13 – Ebisiyaga

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Ebisiyaga.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Oba temumanyi ngʼabatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ngʼabakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga, newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo nʼOmwoyo wa Katonda waffe.

Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okwʼobuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe eyʼobuzaaliranwa nʼabasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa. Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri eyʼobuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. Nʼekyava mu bikolwa ebyo ebyʼobugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe. Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera nʼomutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana.

“ ‘Teweebakanga na musajja nga bwe wandyebase nʼomukazi, ekyo kibi ekikyayibwa ennyo. “ ‘Tokolanga byansonyi ku nsolo kubanga ekyo kinaakufuulanga atali mulongoofu. Omukazi teyeewangayo eri ensolo emukoleko ebyensonyi, okwo kwe kuwabira ddala.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 21 ebitundu

Bwʼatyo Katonda nʼatonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera; nʼabatonda omusajja nʼomukazi.

Noolwekyo omusajja kyʼanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.

Awo Mukama nʼagamba nti, “Olwʼokunkaabirira okusukkiridde olwʼebibi bya Sodomu ne Ggomola ebingi ennyo, nzija kukka ndabe obanga ddala bakozi ba bibi ngʼokunkaabirira olwʼebibi byabwe okutuuse gye ndi bwe kuli, era obanga si bwe kiri nnaamanya.” Awo abasajja ne bakyuka okuva awo, ne batambula okwolekera Sodomu; naye Ibulayimu nʼasigala ngʼakyayimiridde mu maaso ga Mukama. Awo Ibulayimu nʼamusemberera nʼagamba nti, “Ddala olizikiriza abatuukirivu awamu nʼababi? Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu amakumi ataano onookizikiriza nʼotokisonyiwa olwʼabatuukirivu amakumi ataano abakirimu? Kireme okuba gyʼoli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu nʼababi, abatuukirivu ne benkana nʼababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi owʼensi yonna teyandisaanye akole kituufu?” Mukama nʼagamba nti, “Bwe nnaasanga mu Sodomu abatuukirivu amakumi ataano mu kibuga omwo nzija kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.” Ibulayimu nʼaddamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu nʼevvu! Singa abatuukirivu babulako bataano okuwera amakumi ataano, onoozikiriza ekibuga kubanga kubulako bataano?” Nʼamuddamu nti, “Sijja kukizikiriza, bwe nnaasangamu abatuukirivu amakumi ana mu abataano abampulira.” Ate Ibulayimu nʼamugamba nti, “Singa musangibwamu amakumi ana.” Mukama nʼamuddamu nti, “Ku lwʼamakumi ana sijja kukizikiriza.” Ate nʼagamba nti, “Kale nno Mukama aleme okunsunguwalira, nange nnaayogera. Singa musangibwamu amakumi asatu.” Nʼaddamu nti, “Sijja kukizikiriza singa musangibwamu amakumi asatu.” Nʼagamba nti, “Laba ŋŋumye ne njogera ne Mukama. Singa musangibwamu amakumi abiri.” Nʼagamba nti, “Ku lwʼamakumi abiri sijja kukizikiriza.” Ate nʼagamba nti, “Kale Mukama aleme okukwatibwa obusungu, nnaayongera okwogera, naye luno lwokka. Singa kkumi lye linaasangibwamu.” Nʼaddamu nti, “Ku lwʼabo ekkumi sijja kukizikiriza.”

Bamalayika ababiri ne batuuka mu Sodomu akawungeezi; Lutti yali atudde mu mulyango gwa Sodomu. Lutti bwe yabalaba nʼagolokoka okubasisinkana, nʼavuunama, nʼagamba nti, “Bakama bange mukyame mu nnyumba yʼomuddu wammwe munaabe ku bigere, mbegayiridde nʼokusula musule. Munaazuukuka mangu ku makya ne mukwata ekkubo lyammwe.” Ne bagamba nti, “Nedda tunaasula mu luguudo.” Naye nʼabawaliriza nnyo; awo ne bakyama ne bajja gyʼali ne bayingira mu nnyumba ye, nʼabategekera ekijjulo nʼemigaati egitali mizimbulukuse ne balya. Naye nga tebannaba kugenda kwebaka, abasajja abʼomu kibuga, abasajja ba Sodomu, abakulu nʼabato, abantu bonna ne beetooloola ennyumba; ne bayita Lutti nga bagamba nti, “Abasajja abazze gyʼoli ekiro kino bali ludda wa? Batufulumize twebake nabo.” Lutti nʼafuluma gye bali, nʼaggalawo oluggi, nʼabagamba nti, “Baganda bange mbasaba temukola kibi kifaanana bwe kityo. Laba, nnina bawala bange embeerera babiri, ka mbabafulumize, mu bakole kye mwagala; naye temubaako kye mukola basajja bano, bagenyi bange era nze mbalabirira.” Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati yʼatulagira ekyʼokukola! Nedda, tujja kukukolako nʼokusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye nʼoluggi. Naye abasajja ababiri abaali mu nnyumba ne bagolola emikono gyabwe ne bakwata Lutti ne bamuyingiza mu nnyumba ne baggalawo oluggi. Ne baziba amaaso gʼabasajja abaali ebweru ku luggi lwʼennyumba, abato nʼabakulu, ne bakoowa nga bawammanta oluggi.

Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti, “Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino; kubanga tuli kumpi okukizikiriza. Kubanga okukaaba olwʼabantu baamu eri Mukama kuyitiridde, era Mukama atutumye okukizikiriza.” Awo Lutti nʼafuluma nʼategeeza bakoddomi be abaali abʼokuwasa bawala be ngʼagamba nti, “Musituke, muve mu kifo kino, kubanga Mukama ali kumpi kukizikiriza.” Naye yafaanana ngʼabalaata eri bakoddomi be. Lutti nʼabʼennyumba ye ne badduka. Naye obudde bwe bwali bunaatera okukya, bamalayika ne balagira Lutti nga bagamba nti, “Golokoka, otwale mukazi wo ne bawala bo ababiri abali wano muleme okuzikirira ngʼekibuga kibonerezebwa.” Naye bwe yali akyekunya, abasajja ne bamukwata omukono, nʼemikono gya mukazi we, nʼemikono gyʼabawala be bombi, Katonda ngʼabakwatirwa ekisa, ne babafulumya ne babateeka ebweru wʼekibuga. Bwe baabafulumya ne babagamba nti, “Mudduke muwonye obulamu bwammwe, temutunula mabega wadde okuyimirira mu kiwonvu; muddukire ku nsozi, muleme okuzikirizibwa.”

Awo Mukama nʼatonnyesa ku Sodomu ne Ggomola omuliro nʼobuganga okuva mu ggulu;

Naye mukazi wa Lutti bwe yatunula emabega, nʼafuuka empagi eyʼomunnyo.

“ ‘Teweebakanga na musajja nga bwe wandyebase nʼomukazi, ekyo kibi ekikyayibwa ennyo. “ ‘Tokolanga byansonyi ku nsolo kubanga ekyo kinaakufuulanga atali mulongoofu. Omukazi teyeewangayo eri ensolo emukoleko ebyensonyi, okwo kwe kuwabira ddala.

“ ‘Omusajja bwʼaneebakanga ne musajja munne nga bwe yandyebase nʼomukazi, bombi banaabanga bakoze ekyʼekivve; era banattibwanga, nʼomusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.

Omukazi taayambalenga ngoye za kisajja, so nʼomusajja taayambalenga ngoye za kikazi; kubanga abakola ebyo Mukama Katonda wammwe abakyayira ddala.

Yesu nʼabaddamu nti, “Temusomanga nti, ‘Okuva ku lubereberye Katonda yatonda omusajja nʼomukazi,’ era nti, ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu, nga tebakyali babiri naye omuntu omu.’ Noolwekyo Katonda be yamala okugatta awamu omuntu taabaawukanyenga.”

Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja nʼomukazi. Omusajja kyʼanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, nʼagenda nʼagattibwa ne mukazi we. Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta, omuntu takyawukanyanga.”

Mbategeeza nti Mu ngeri yʼemu omukozi wʼebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”

Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe,

Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira ebyʼobugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka. Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo kyʼokusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe nʼemirembe. Amiina. Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okwʼobuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe eyʼobuzaaliranwa nʼabasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa. Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri eyʼobuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. Nʼekyava mu bikolwa ebyo ebyʼobugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe. Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera nʼomutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana. Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, nʼebibi, nʼomululu, nʼobukyayi, nʼobuggya, nʼobussi, nʼentalo, nʼobulimba, nʼenkwe, nʼokwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo, era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala nʼokwekulumbaza, nga bagunjawo enkola yʼebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe. Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira. Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti Abantu abakola ebintu ngʼebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima nʼabo ababikola.

Oba temumanyi ngʼabatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ngʼabakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga, newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo nʼOmwoyo wa Katonda waffe.

Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, nʼabatatya Katonda, nʼabatali batukuvu, nʼabagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era nʼabatta abantu abalala, nʼabenzi, nʼabalya ebisiyaga, abagula nʼabatunda abaddu, abalimba nʼabalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu,

Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olwʼokusalirwako omusango. Nʼensi eyʼedda teyagisaasira, nʼaleeta amataba ku nsi okuzikiriza abo abataamutya, nʼalokolako Nuuwa eyabuulira obutuukirivu wamu nʼabalala musanvu. Era yasalira omusango abaali mu bibuga byʼe Sodomu nʼe Ggomola bwe yabazikiriza, ne bisirikka mu muliro, bwʼatyo nʼalaga ebyo ebigenda okutuuka ku buli atatya Katonda. Kyokka nʼawonya Lutti, omutuukirivu, eyalumwanga ennyo olwʼobulamu obwʼabantu abo abajeemu. Olwʼokubanga yababeerangamu, buli lunaku, yalabanga era nʼawuliranga ebikolwa ebyʼobujeemu bye baakolanga, ekyo ne kimuleetera okunyolwa mu mwoyo gwe omutuukirivu. Mukama amanyi okuwonya nʼokuggya mu kugezesebwa abamutya, nʼabonereza abatali bakkiriza okutuusa ku lunaku olwʼokusalirako omusango, nʼokusingira ddala abo abagoberera okwegomba kwabwe okwʼomubiri ne banyooma abakulembeze baabwe. Tebaliiko kye batya, beerowoozaako bokka, era tebakwatibwa na nsonyi kuvuma baakitiibwa.

Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ngʼabamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.

ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira nʼebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere nʼabassa mu kkomera eryʼekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango. Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola nʼebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi nʼobwenzi, nga nʼabasajja bakolaganako ebyʼensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa nʼomuliro, era byabonerezebwa nʼomuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli. Mu ngeri yʼemu abo abaloota bagwagwawaza omubiri, ate oludda ne banyooma obuyinza, ne bavvoola ne bamalayika.

Naye abo ababi nʼabatakkiriza nʼabagwagwa, nʼabassi, nʼabenzi, nʼabalogo nʼabasinza ebifaananyi, nʼabalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja eyʼomuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net