10 – Obatizo
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Obatizo.
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Obatizo.
Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ngʼomuntu azaaliddwa amazzi nʼOmwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, nʼekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo.
”Peetero nʼabagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu.
”Abantu bonna, awamu nʼabasolooza bʼomusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana. Naye Abafalisaayo nʼabayigiriza bʼamateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
”Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, nʼOmwoyo wa Katonda ngʼatambulira ku mazzi.
”Noolwekyo mukomole emitima gyammwe, era mukomye okubeera nʼamawagali.
”Nnaazaako obutali butuukirivu bwange, ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
”Onnaaze nʼezobu ntukule onnaaze ntukule nʼokusinga omuzira.
”muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi, mulekeraawo okukola ebibi.
”Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe. Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?
”Ndibamaansirako amazzi amayonjo, era ndibaggyako obutali bulongoofu bwammwe bwonna nʼokuva ku bakatonda abalala bonna, ne mbafuula abalongoofu. Ndibawa omutima omuggya era ne nteeka nʼomwoyo omuggya mu mmwe. Ndibaggyamu omutima ogwʼejjinja ne mbawa omutima ogwʼennyama. Era ndibawa Omwoyo wange alibakubiriza okugoberera ebiragiro byange nʼokukuuma obulungi amateeka gange.
”Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira byʼabuulira. Nʼababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe. Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi nʼAbasaddukaayo nga bajja okubatizibwa nʼabagamba nti, “Mmwe, abaana bʼessalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza.
”Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala, gutemebwa gusuulibwe mu muliro, gugye.” “Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu nʼomuliro. Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”
”Awo Yesu nʼava e Ggaliraaya nʼajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana. Naye Yokaana nʼayagala okugaana, nʼagamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gwʼojja gye ndi?” Yesu nʼamuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana nʼamukkiriza. Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka nʼalaba Omwoyo wa Katonda ngʼamukkako mu kifaananyi kyʼejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
”Yesu nʼaddamu nti, “Mumale okunziramu ekibuuzo kyange kino, nange ndyoke mbabuulire obuyinza bwe nkozesa bino. Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Kwava mu ggulu oba mu bantu?” Ne basooka ne boogeraganyaamu bokka na bokka nti, “Bwe tugamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale lwaki temwamukkiriza?’ ” “Ate bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna bamanyi nga Yokaana yali nnabbi,” Bwe batyo ne baddamu nti, “Tetumanyi!” Yesu kwe ku baddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza bwe nkozesa bino.”
”Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo nʼokutuukira ddala ensi lwʼeriggwaawo.”
”Yokaana yajja ngʼabatiriza mu ddungu, ngʼabuulira okubatiza okwʼokwenenya olwʼokusonyiyibwa ebibi. Ensi yonna eyʼe Buyudaaya nʼabantu bonna abʼomu Yerusaalemi, ne bagendanga gyʼali, nʼababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. Yokaana yayambalanga ekyambalo ekyʼobwoya bwʼeŋŋamira, ne yeesibanga olukoba olwʼeddiba mu kiwato kye, era yalyanga nzige na mubisi gwa njuki. Yabuuliranga ngʼagamba nti, “Waliwo omuntu omukulu era ansinga amaanyi ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula bukoba bwa ngatto ze. Nze mbabatiza na mazzi, naye ye alibabatiza na Mwoyo Mutukuvu.”
”Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu nʼava e Nazaaleesi mu Ggaliraaya nʼajja, Yokaana nʼamubatiza mu mugga Yoludaani. Awo Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, nʼalaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo ngʼali ngʼejjiba ngʼamukkako. Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa, ggwe, gwe nsanyukira ennyo.”
”Naye Yesu nʼabaddamu nti, “Bwe munaamala okunziramu ekibuuzo kyange kimu, nange nʼababuulira eyampa obuyinza obwo! Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu oba kwava eri bantu? Munziremu!” Ne bakubaganya ebirowoozo bokka na bokka nti, “Bwe tuddamu nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ Naye, ate bwe tuddamu nti, ‘Kwava eri bantu.’ ” Baali batya ekibiina kyʼabantu. Kubanga buli muntu yalowooza Yokaana okuba nnabbi. Ne baddamu Yesu nti, “Tetumanyi.” Awo Yesu nʼabaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza obunkoza ebintu ebyo gye mbuggya.”
”Nʼabagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna. Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga. Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya.
”Yokaana nʼatambulanga ngʼagenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ngʼategeeza abantu obubaka obwʼokubatizibwa obwʼokwenenya olwʼokusonyiyibwa ebibi,
”Kyeyava agamba abantu abajjanga gyʼali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana bʼemisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu. Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo kyʼemiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”
”Awo abasolooza bʼomusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”
”Yokaana nʼaddamu bonna ngʼagamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, nʼokusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza nʼomuliro ne Mwoyo Mutukuvu; nʼolugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye nʼokukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya nʼomuliro ogutazikira.”
”Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu nʼabatizibwa. Yesu nʼasaba, eggulu ne libikkuka, Mwoyo Mutukuvu nʼamukkako mu kifaananyi ekyʼejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
”Abantu bonna, awamu nʼabasolooza bʼomusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana. Naye Abafalisaayo nʼabayigiriza bʼamateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
”Awo Yokaana Omubatiza nʼabategeeza nga bwe yalaba Mwoyo Mutukuvu ngʼakka okuva mu ggulu ngʼali ngʼejjiba nʼabeera ku Yesu, nʼabagamba nti, “Nze saamutegeera, kyokka Katonda bwe yantuma okubatiza yaŋŋamba nti, ‘Bwʼolabanga Mwoyo Mutukuvu ngʼakka nʼabeera ku muntu, nga oyo, ye Kristo abatiza ne Mwoyo Mutukuvu.’ Ekyo nkirabye era nkiweerako obujulirwa nti Ye Mwana wa Katonda.”
”Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bwʼatazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” Nikodemo nʼamuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bwʼaba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, nʼazaalibwa?” Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ngʼomuntu azaaliddwa amazzi nʼOmwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, nʼekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. Noolwekyo teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri.
”Oluvannyuma lwʼebyo Yesu nʼabayigirizwa be ne bajja mu nsi yʼe Buyudaaya, nʼabeera eyo nabo, era nʼabatiza. Mu kiseera ekyo ne Yokaana yali abatiriza mu Enoni okumpi ne Salimu, kubanga awo waaliwo amazzi mangi, era ngʼabantu bangi bajja okubatizibwa,
”Ne wabaawo empaka wakati wʼabayigirizwa ba Yokaana nʼOmuyudaaya ku nsonga eyʼokutukuzibwa. Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti, “Labbi, omuntu oli gwe wali naye emitala wʼomugga Yoludaani, gwe wayogerako, laba abatiza era abantu bonna bagenda gyʼali.” Yokaana nʼabaddamu nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu.
”Awo Yesu bwe yamanya nti Abafalisaayo bategedde nti Abantu bangi bafuuse bayigirizwa be, era ngʼabatiza bangi okusinga Yokaana, newaakubadde nga Yesu yennyini teyabatiza wabula abayigirizwa be, be baabatizanga, nʼava e Buyudaaya nʼaddayo e Ggaliraaya.
”“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange,
”Awo bwe yali ngʼalya nabo ekijjulo nʼabalagira baleme kuva mu Yerusaalemi naye balindirire ekisuubizo kya Kitaawe. Yagamba nti, “Ekyo kye mwawulira nga mbagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mujja kubatizibwa na Mwoyo Mutukuvu mu nnaku si nnyingi.’ ”
”Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu. Amangwago okuwuuma, nga kuli ngʼempewo eyʼamaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde. Ku buli omu ne kutuulako ennimi ngʼezʼomuliro. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ezʼenjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.
”Peetero nʼabagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu.
”Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ngʼenkumi ssatu. Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kwʼabatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba. Buli muntu nʼajjula okutya era ebyamagero bingi nʼobubonero bungi ne bikolebwanga abatume.
”Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ngʼabuulira ku bwakabaka bwa Katonda nʼerinnya lya Yesu Kristo abasajja nʼabakazi ne babatizibwa. Awo ne Simooni yennyini nʼakkiriza era nʼabatizibwa, nʼagobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni nʼabyewuunya nnyo.
”Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira ngʼabantu mu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana. Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu, kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka. Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.
”Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe nʼagamba nti “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?” Awo Firipo nʼamugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bwʼoba ngʼokkiriza nʼomutima gwo gwonna.” Omulaawe nʼaddamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.” Awo nʼalagira omugoba wʼeggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo nʼamubatiza. Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama nʼatwala Firipo, Omulaawe nʼataddayo kumulaba nate, naye nʼatambula olugendo lwe ngʼajjudde essanyu. Naye Firipo nʼalabikira mu Azoto, nʼagenda ngʼabuulira Enjiri mu bibuga byonna ebyʼomu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.
”Amangwago ebintu ebyali ngʼamagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo nʼasobola okulaba, nʼayimirira nʼabatizibwa.
”“Waliwo ayinza okuziyiza abantu bano okubatizibwa nʼamazzi abafunye Mwoyo Mutukuvu nga ffe bwe twamufuna?” Bwʼatyo nʼalagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Ne basaba Peetero agira abeera nabo okumala ennaku ntonotono.
”Awo ne nzijukira ebigambo bya Mukama waffe bwe yagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.’ Olwʼokubanga Katonda ye yawa Abaamawanga bano ekirabo kye kimu, naffe kye yatuwa bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nange nze ani eyandiwakanyizza Katonda?” Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, nʼAbamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gyʼali abawe obulamu obutaggwaawo.”
”“Mu zzadde lye, Katonda mwe yalonda Omulokozi, ye Yesu, nga bwe yasuubiza Isirayiri. Naye nga tannajja, Yokaana yabuulira abantu bonna mu Isirayiri okubatizibwa okwʼokwenenya.
”Omu ku bakazi abo erinnya lye nga ye Ludiya, yali musuubuzi wa ngoye ezʼeffulungu ngʼabeera mu kibuga Suwatira. Yali asinza Katonda bulijjo. Katonda nʼamubikkulira okutegeera obulungi ebyo Pawulo bye yali ayigiriza. Bwʼatyo nʼabatizibwa nʼabʼomu nnyumba ye bonna. Nʼatuyita tumukyalire mu maka ge, ngʼagamba nti, “Obanga mukakasa nti Nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” Nʼatuwaliriza.
”Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe nʼennyumba yo yonna.” Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye nʼabʼomu maka ge bonna. Mu kiseera ekyo kyennyini nʼabatwala nʼabanaaza ebiwundu. Era ye nʼabʼomu maka ge bonna ne babatizibwa.
”Kulisupo, eyali omukulu wʼekkuŋŋaaniro, nʼennyumba ye yonna, ne bakkiriza Mukama waffe, nʼabalala bangi ku Bakkolinso abaawulira ne bakkiriza era ne babatizibwa.
”nʼababuuza nti, “Bwe mwakkiriza mwafuna Mwoyo Mutukuvu?” Ne bamuddamu nti, “Nedda tetuwuliranga nti waliwo Mwoyo Mutukuvu.” Nʼababuuza nti, “Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki?” Ne bamuddamu nti, “Twakkiriza ebyo Yokaana Omubatiza bye yatuyigiriza.” Awo Pawulo nʼabagamba nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okwʼokwenenya eri abantu ngʼagamba nti Agenda okujja oluvannyuma lwe bamukkirize. Kino kitegeeza nti ye Yesu.” Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu. Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutukuvu nʼabakkako, ne batandika okwogera ennimi endala era nʼokuwa obunnabbi.
”Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bwʼoyatudde erinnya lye.’
”Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olwʼekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya. Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi ekyʼokufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. Tumanyi kino nti omuntu waffe owʼedda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gwʼekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. Omuntu bwʼafa aba takyafugibwa kibi. Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye
”Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
”Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olwʼekibi, ate ngʼomwoyo gwammwe mulamu olwʼobutuukirivu.
”Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo nʼOmwoyo wa Katonda waffe.
”Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.
”Noolwekyo omuntu yenna bwʼabeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; ebyʼedda nga bigenze, laba ngʼafuuse muggya.
”Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olwʼokukkiriza Yesu Kristo, kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo.
”Edda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe.
”ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa. Katonda yatuzuukiriza wamu ne Kristo okuva mu kufa ne tufuna obulamu, era atutuuzizza mu bifo ebyʼomu ggulu, okumpi ne Kristo Yesu.
”Omubiri nga bwe guli ogumu, nʼOmwoyo omu, nʼessuubi liri limu eryʼokuyitibwa kwammwe. Mukama waffe ali omu, nʼokukkiriza kumu nʼokubatizibwa kumu.
”Yaginaaza nʼamazzi, nʼagitukuza nʼekigambo kye, alyoke yeefunire Ekkanisa eyʼekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde.
”Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kwʼomubiri, naye si okukomolebwa okwʼengalo zʼabantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo. Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olwʼokukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.
”Noolwekyo tulekeraawo okuyiga ebintu bya Kristo ebisookerwako, tukule mu byʼomwoyo. Tulekeraawo okwogera ku bisookerwako byokka, ngʼokwenenya ebikolwa ebireeta okufa, byʼebikolwa ebyʼobulombolombo, naye tuteekwa nʼokuba nʼokukkiriza mu Katonda. Tulekeraawo okuyigiriza obulombolombo obwʼokubatizibwa, nʼobwʼokussibwako emikono, nʼenjigiriza eyʼokuzuukira kwʼabafu, nʼokusalirwa omusango ogwʼolubeerera. Katonda nga bwʼasiima, tukule mu mwoyo.
”Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu wʼAwatukuvu olwʼomusaayi gwa Yesu, eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe, kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga yʼafuga ennyumba ya Katonda, tusembere awali Katonda nʼomwoyo ogwʼamazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga nʼemibiri gyaffe ginaazibbwa nʼamazzi amatukuvu.
”Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olwʼokukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana nʼomutima ogutaliimu bukuusa. Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era ekyʼolubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri.
”Amazzi ago gaali kabonero akʼokubatizibwa mulyoke mulokolebwe kaakano. Kubanga okubatizibwa tekitegeeza kunaazibwako kko lya mubiri, wabula kitegeeza kwewaayo eri Katonda nga tumaliridde okukola byʼayagala, ngʼatuwadde omutima omulongoofu olwʼokuzuukira kwa Yesu Kristo,
”“Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa olukusa okuyingira mu miryango gyʼekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogwʼobulamu.
”