09 – Okwenenya

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Okwenenya.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe bwe mugenda okuzikirira bwe mutyo.”

Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Okuba nʼomukono ogumu nʼoyingira mu bulamu kisinga okuba nʼemikono ebiri nʼolaga mu ggeyeena, envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira.

Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ngʼabamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 517 ebitundu

Mukama Katonda nʼalagira omuntu nti, “Emiti gyonna egyʼomu nnimiro olyangako, naye omuti ogwʼokumanya ekirungi nʼekibi ogwo togulyangako, kubanga lwʼoligulyako tolirema kufa.”

Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama nʼamulabikira, nʼamugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.

Musa nʼagamba abantu nti, “Temutya, kubanga Katonda azze kubagezesa, mumutyenga bulijjo, mulyoke muleme okwonoona.”

nʼayimirira mu mulyango gwʼolusiisira, nʼagamba nti, “Ani ali ku ludda lwa Mukama? Ajje wano we ndi.” Awo batabani ba Leevi bonna ne bakuŋŋaanira wʼali.

Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakwatanga omutwe gwakyo, era kinakkirizibwanga ku lulwe kiryoke kimutangiririre olwʼebibi bye.

“Omuntu bwʼanazzanga omusango mu kyonna kyonna ku ebyo ebizze byogerwako, anaateekwanga okwatula ekibi ekyo kyʼanaabanga akoze,

Awo kabona anaatangiririranga omuntu oyo mu maaso ga Mukama, era anaasonyiyibwanga mu bintu ebyo byonna byʼanaabanga akoze nʼazza omusango.”

Mu ngeri eyo anaatangiririranga Ekifo ekyʼAwatukuvu Ennyo olwʼobutali bulongoofu nʼobujeemu ebyʼabaana ba Isirayiri, nʼolwʼebyonoono byabwe ebirala byonna nga bwe byali. Era anaakolanga bwʼatyo ne ku Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu eri mu bo wakati mu butali bulongoofu bwabwe.

kubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda.

Kubanga obulamu bwʼekitonde buli mu musaayi, ate nkibawadde okubatangiririra ku kyoto; omusaayi gwe gutangiririra obulamu bwʼomuntu.

“ ‘Noolwekyo mwetukuze mubeerenga batukuvu, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.

Olunaku olwo temulukolerangako mulimu na gumu, kubanga lwe Lunaku olwʼOkutangiririrwa, lwe munaatangiririrwanga awali Mukama Katonda. Omuntu yenna anaagaananga okwefiiriza ku lunaku olwo kinaamugwaniranga okuwaŋŋangusibwa nʼaggyibwa mu banne.

“Naye bwe baneenenyanga ebibi byabwe nʼebyonoono bya bakitaabwe nʼobunnanfuusi bwabwe gye ndi nʼobujeemu bwabwe,

“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Omuntu yenna omusajja oba omukazi bwʼanaasobyanga eri munne mu ngeri yonna, bwʼatyo anaabanga asobezza eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaabangako omusango,

Abantu ne bajja awali Musa, ne bamugamba nti, “Twayonoona bwe twakwemulugunyiza ne twemulugunyiza ne Mukama Katonda, ne tuboogerako bubi. Tusaba weegayirire Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa nʼasabira abantu.

Naye ngʼoli eyo, bwʼonoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga nʼomutima gwo gwonna awamu nʼomwoyo gwo gwonna. Ebintu ebyo byonna bwe binaakutuukangako nʼolaba ennaku nnyingi, olwo onookomangawo eri Mukama Katonda wo mu biseera ebyʼoluvannyuma, nʼomugonderanga. Kubanga Mukama Katonda wo ajjudde okusaasira, taakusuulirirenga wadde okukuzikiriza, oba okwerabira endagaano ye gye yakola ne bajjajjaabo gye yabalayiririra.

“Noolwekyo mwegenderezenga nnyo, mukolenga nga Mukama Katonda wammwe bwʼabalagidde; mulemenga okukyama okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono.

Oyagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼomwoyo gwo gwonna, nʼamaanyi go gonna. Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. Ogayigirizanga abaana bo nʼobwegendereza. Ogoogerengako bwʼonoobanga otudde mu maka go, ne bwʼonoobanga otambula mu kkubo, bwʼonoobanga ogalamiddeko, ne bwʼonoobanga ogolokose. Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obwʼokukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo. Onoogawandiikanga ku myango gyʼennyumba yo, era ne ku nzigi zo.

“Otyanga Mukama Katonda wo. Ye gwʼobanga oweereza yekka, era mu linnya lye lyokka mwʼobanga olayiriranga.

Kubanga bagenda kukyamya mutabani wo alekerengaawo okugoberera Mukama, baweerezenga bakatonda abalala; era obusungu bwa Mukama bunaababuubuukirangako nʼakuzikiriza mangu. Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro. Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama. Mukama Katonda wo yakulonda okuva mu mawanga gonna agali ku nsi okubeeranga eggwanga lye, lye yeefunira lyʼasuuta ennyo.

Kikugwanira obenga muwulize nnyo, atuukiridde mu maaso ga Mukama Katonda wo.

Mukama Katonda wo alikomola omutima gwo, nʼomutima gwa bazzukulu bo, bwʼotyo oyagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼemmeeme yo yonna, olyoke obeerenga omulamu.

Naye abaana ba Isirayiri ne bagamba Mukama Katonda nti, “Twayonoona. Tukole kyonna kyʼonoolaba nga kye kitusaanira. Kyokka tulokole kaakano.

Sizzanga na musango mu maaso ge, era neekuumye eri obutali butuukirivu.

Naye Dawudi nʼakeŋŋeentererwa emmeeme olwʼekikolwa ekyo ekyʼokubala abantu. Nʼagamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olwʼekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gwʼazizza, kubanga nkoze ekyʼobusirusiru.”

nʼayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tewali Katonda akufaanana mu ggulu waggulu oba wansi ku nsi, gwe akuuma endagaano yo eyʼokwagala nʼokuuma nʼabaddu bo abatambulira mu maaso go nʼemitima gyabwe gyonna.

omuntu yenna ku bantu bo bwʼanaasabiranga ekintu kyonna, buli omu nʼamanya endwadde eyʼomu mutima gwe, era nʼayanjuluza emikono gye eri yeekaalu eno, kale owulirenga ngʼoli mu ggulu, ekifo gyʼobeera. Osonyiwenga era okolenga buli muntu ngʼebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka ggwe omanyi, emitima gyʼabantu bonna,

Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna; mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.

“Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga nʼomutima gumu nʼemmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okwʼebirowoozo. Bwʼonoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bwʼonoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna.

“Bwe banaakolanga ebisobyo, kubanga tewaliwo muntu atasobya, nʼobasunguwalira, nʼobawaayo eri omulabe, ne batwalibwa nga basibe mu nsi eyʼewala oba eyʼokumpi, oluvannyuma ne beenenya mu mutima nga bali mu nsi gye bali abasibe, ne bakwegayiririra mu nsi eyʼokusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola ebyʼobubambavu, era twagira ekyejo,’ era bwe beenenyanga nʼomutima gwabwe gwonna nʼemmeeme yaabwe yonna mu nsi eyʼokusibibwa kwabwe gye baatwalibwa, ne basaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, nʼeri ekibuga kye walonda, nʼeri eyeekaalu gye nazimba ku lwʼErinnya lyo, kale, owulirenga okusaba kwabwe nʼokwegayirira kwabwe, ngʼosinziira mu ggulu, ekifo gyʼobeera obaddiremu, era osonyiwe abantu bo abakwonoonye.”

Mukama nʼamulabikira mu kiro nʼamugamba nti, “Mpulidde okusaba kwo, era neerobozza gye ndi ekifo kino okuba eyeekaalu eyʼokuweerangamu ssaddaaka.” “Bwe nnaggalangawo eggulu enkuba ne tatonnya, oba ne ndagira enzige okulya ensi oba ne nsindikira abantu bange kawumpuli, abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe. Era amaaso gange ganaazibukanga, nʼamatu gange ganaawuliranga esaala ezinaawebwangayo mu kifo kino.

Ne beeyama okunoonyanga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, nʼomutima gwabwe gwonna, nʼemmeeme yaabwe yonna.

Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne njuza ekkanzu yange nʼomunagiro gwange, ne nkunyuula enviiri ku mutwe gwange ne mu kirevu kyange ne ntuula wansi nga nnakuwadde. Bonna abatya ebigambo bya Katonda wa Isirayiri ne bakuŋŋaanira we ndi, olwʼobutali bwesigwa obwʼabaawaŋŋangusibwa. Ne ntuula wansi nga nnakuwadde okutuusa ekiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi bwe kyatuuka. Awo mu kiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi ne ngolokoka okuva we nnali ntudde, nʼekkanzu yange enjulifu nʼomunagiro gwange omuyulifu, ne nfukamira ne ngolola emikono gyange eri Mukama Katonda wange,

Awo Ezera bwe yali ngʼasaba, ngʼayatula ebibi mu lwatu, ngʼakaaba, era ngʼavunnamye mu maaso gʼennyumba ya Katonda, ekibiina ekinene ekyʼAbayisirayiri, abasajja, nʼabakyala, nʼabaana ne bakuŋŋaana gyʼali, nabo nga bakaaba nnyo nnyini.

Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula wansi ne nkaaba, ne mmala ebiro nga nnakuwadde, nga nsiiba era nga nsaba mu maaso ga Katonda wʼeggulu. Ne njogera nti, “Ayi Mukama Katonda wʼeggulu, Katonda omukulu owʼentiisa, akuuma endagaano ye, era ayagala abo abagondera amateeka ge. Ozibule amaaso go, otege okutu okuwulira okusaba kwʼomuddu wo kwe nsaba mu maaso go emisana nʼekiro ku lwa baddu bo abantu ba Isirayiri. Njatula ebibi bye twakola, ffe Abayisirayiri, nga nange nʼennyumba ya kitange mwe tuli. Twasobya mu maaso go, ne tutagoberera mateeka go nʼebiragiro byo bye watuma omuddu wo Musa.”

“Abantu abalala bakabona, nʼAbaleevi, nʼabaakuumanga wankaaki, nʼabayimbi, nʼabaweereza bʼomu yeekaalu, nʼabo bonna abeeyawula ku mawanga agaali gabaliraanye olwʼAmateeka ga Katonda, awamu ne bakyala baabwe, ne batabani baabwe bonna ne bawala baabwe bonna; bonna abamanyi era abategeera beegatte ku baganda baabwe abakungu balayire okugobereranga Amateeka ga Katonda agaabaweebwa Musa omuddu wa Katonda, nʼokugonderanga, amateeka gonna, nʼebiragiro, byonna ebya Mukama Katonda waffe.”

Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze? Ndaga ekibi kyange era nʼomusango gwange. Lwaki okweka amaaso go, nʼonfuula omulabe wo?

Era ngʼolususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;

leka mpimibwe ku minzaani ya Katonda amanye obutuukirivu bwange.

Awo omuntu nʼakomawo eri abantu nʼabagamba nti, Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi, naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde. Yanunula emmeeme yange nʼamponya okukka mu bunnya; kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.

Amatu gange gaali gaakuwulirako dda, naye kaakano amaaso gange gakulabye. Kyenvudde neenyooma era neenenyezza mu nfuufu ne mu vvu.”

Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera. Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.

Naye Mukama afuga emirembe gyonna; era ataddewo entebe ye eyʼokusalirako emisango. Aliramula ensi mu butuukirivu, era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.

Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga; kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka; era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.

Sisobyanga mu maaso ge era nneekuuma obutayonoona.

Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna; kubanga ggwe Katonda, owʼobulokozi bwange era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.

Tojjukira bibi byange nʼobujeemu bwange ebyʼomu buvubuka bwange. Onzijukire, Ayi Mukama, ngʼokwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.

Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange; onzigyeko ebibi byange byonna.

Mutendereze Mukama nʼekitiibwa ekisaanira erinnya lye; musinze Mukama mu kitiibwa ekyʼobutukuvu bwe.

Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo; ondokole, Ayi Mukama, Katonda owʼamazima.

Zabbuli ya Dawudi. Masukiri Alina omukisa oyo asonyiyiddwa ebyonoono bye ekibi ne kiggyibwawo.

Awo ne nkwatulira ekibi kyange, ne sibikkirira kwonoona kwange. Ne njogera nti, “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.” Bwʼotyo nʼonsonyiwa, nʼonziggyako omusango gwʼebibi byange.

Ensi yonna esaana etyenga Mukama, nʼabantu abʼomu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;

Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu, nʼamatu ge gawulira okukaaba kwabwe. Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi, okubasaanyizaawo ddala nʼobutaddayo kujjukirwa ku nsi. Abatuukirivu bakoowoola Mukama nʼabawulira nʼabawonya mu byonna ebiba bibateganya. Mukama abeera kumpi nʼabalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.

Mukama anunula abaweereza be; so tewali nʼomu ku abo abaddukira gyʼali alibonerezebwa.

Ddala ddala njatula ebyonoono byange; nnumirizibwa ekibi kyange.

Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ngʼamaze okutwala Basuseba nʼokutemula bba, Uliya. Onsaasire, Ayi Mukama, ggwe alina okwagala okutaggwaawo. Olwʼokusaasira kwo okungi nziggyaako ebyonoono byange byonna. Nnaazaako obutali butuukirivu bwange, ontukulize ddala okuva mu kibi kyange. Ebyonoono byange mbikkiriza, era ebibi byange mbimanyi bulijjo. Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye, ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ngʼolaba; noolwekyo byʼoyogera bituufu, era nʼensala yo eyʼomusango ya bwenkanya.

Onnaaze nʼezobu ntukule onnaaze ntukule nʼokusinga omuzira.

Totunuulira bibi byange, era osangule ebyonoono byange byonna. Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda, era onteekemu omwoyo omulungi munda yange. Tongoba wʼoli, era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.

Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange, nʼokusobya kwange tekukukwekeddwa.

Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda; gwʼoleeta obulokozi mu nsi.

tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda; ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.

Totubalira kibi kya bajjajjaffe; tukusaba oyanguwe okutusaasira kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo. Tuyambe olwʼekitiibwa kyʼerinnya lyo, Ayi Katonda owʼobulokozi bwaffe; otuwonye era otutangiririre olwʼebibi byaffe olwʼerinnya lyo.

Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama; nʼabo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.

Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira, tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.

Tatukola ngʼokwonoona kwaffe bwe kuli, wadde okutusasula ngʼebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri. Ngʼeggulu bwe litumbidde ennyo waggulu wʼensi, nʼokwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya. Ebibi byaffe abituggyako nʼabitwala wala ngʼebuvanjuba bwʼeri ewala okuva ebugwanjuba.

Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo emirembe gyonna, nʼobulokozi bwe eri abaana bʼabaana baabwe. Be bo abakuuma endagaano ye ne bajjukira okugondera amateeka ge. Mukama anywezezza entebe ye eyʼobwakabaka mu ggulu, nʼobwakabaka bwe bufuga ensi yonna.

Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola; tukoze ebibi ne tusobya nnyo.

Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu. Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.

Si ffe, Ayi Mukama, si ffe. Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa, olwʼokwagala kwo nʼolwʼobwesigwa bwo.

Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu; abatambulira mu mateeka ga Mukama. Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye, era abanoonya Mukama nʼomutima gwabwe gwonna. Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.

Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.

Amaziga gakulukuta mu maaso gange ngʼomugga, olwʼabo abatakwata mateeka go.

Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama, kubanga Mukama yʼalina okwagala okutaggwaawo; era yʼalina okununula okutuukiridde.

wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa, era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.

Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, naye abasirusiru banyooma amagezi nʼokulagirirwa.

Weesige Mukama nʼomutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka. Mukama mukulembezenga mu byʼokola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga nʼowangula. Amagezi go tegakusigulanga, naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.

Toyingiranga mu kkubo lyʼabakozi bʼebibi, wadde okutambulira mu kkubo lyʼabantu aboonoonyi. Lyewalenga, tolitambulirangamu, liveeko okwate ekkubo lyo.

Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi; nkyawa amalala nʼokwemanya, nʼobuteeyisa bulungi nʼenjogera eyʼobubambaavu.

Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama, nʼokusaba kwe tekukkirizibwa.

Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana, naye buli abyatula nʼabireka, alisaasirwa. Alina omukisa omuntu atya Mukama ebbanga lyonna, naye oyo akakanyaza omutima gwe abonaabona.

Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu, atakola bibi.

Kale byonna biwuliddwa; eno yʼenkomerero yaabyo: Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge, kubanga ekyo omuntu kyʼagwanira okukola. Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa; ekyo ekyakwekebwa, nga kirungi oba nga kibi.

muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi, mulekeraawo okukola ebibi.

“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,” bwʼayogera Mukama; “ebibi byammwe ne bwe biba ngʼolugoye olumyufu binaafuuka byeru ngʼomuzira, ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu, binaatukula ngʼebyoya byʼendiga.

Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi nʼekirungi ekibi, abafuula ekizikiza okuba ekitangaala, nʼekitangaala okuba ekizikiza, abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera nʼekiwoomerera okuba ekikaawa. Zibasanze abo abeeraba ngʼabalina amagezi, era abagezigezi bo nga bwe balaba.

Era nʼalikomya ku kamwa kange, nʼagamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era nʼekibi kyo kikusonyiyiddwa.”

“Nze Mukama, nakuyita mu butuukirivu. Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma. Ndikufuula okuba endagaano eri abantu, era omusana eri bannamawanga.

“Nze, Nze mwene, nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze, so sirijjukira bibi byo. Nzijukiza ebyʼedda, tuwoze ffembi, jjangu ensonga tuzoogereko fembi, yogera ebiraga nga toliiko musango.

Ebyonoono byo mbyezeewo nʼembisenda ngʼekire, nʼebibi byo ne mbyerawo ngʼolufu olwʼomu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula. Yimba nʼessanyu ggwe eggulu kubanga ekyo Mukama yakikoze. Muleekaane nʼessanyu mmwe abali wansi ku nsi. Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu. Mukama anunudde Yakobo era yeegulumiriza mu Isirayiri.”

Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe. Muteese muyambagane. Ani eyayogera nti kino kiribaawo? Ani eyakyogerako edda? Si nze Mukama? Tewali Katonda mulala wabula nze, Katonda omutuukirivu era Omulokozi, tewali mulala wabula nze.” “Mudde gye ndi, mulokoke, mmwe mwenna abali ku nkomerero zʼensi, kubanga nze Katonda so tewali mulala.

Nʼabo Mukama be wawonya balikomawo ne bajja mu Sayuuni nga bayimba. Essanyu eryʼemirembe nʼemirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe. Balisanyuka ne bajaguza; ennaku nʼokusinda bibadduke.

Naye yafumitibwa olwʼokusobya kwaffe. Yabetentebwa olwʼobutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera nʼemirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya. Ffenna twawaba ngʼendiga; buli omu ku ffe nʼakwata ekkubo lye; Mukama nʼamuteekako obutali butuukirivu bwaffe ffenna.

Munoonye Mukama nga bwʼakyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bwʼakyali okumpi. Omubi aleke ekkubo lye, nʼatali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye. Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe kubanga anaamusonyiyira ddala. “Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe era nʼamakubo gammwe si ge makubo gange,” bwʼayogera Mukama. “Ngʼeggulu bwe liri waggulu okukira nʼensi, bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo nʼamakubo gammwe, nʼebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.

Kubanga bwʼatyo bwʼayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe nʼemirembe, owʼerinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu nʼoyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gwʼabakkakkamu, era nʼogwʼabo ababoneredde.

Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu nʼabali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, nʼabasibe bateebwe bave mu makomera. Okulangirira omwaka gwa Mukama ogwʼokulabiramu obulungi bwe; olunaku lwa Mukama olwʼokuwalanirako eggwanga era nʼokuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga. Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga, okubawa engule eyʼobubalagavu mu kifo kyʼevvu, nʼamafuta agʼessanyu mu kifo kyʼennaku. Ekyambalo kyʼokutendereza mu kifo kyʼomwoyo wʼokukeŋŋeentererwa balyoke bayitibwe mivule gyʼabutuukirivu, ebisimbe bya Mukama, balyoke baweebwe ekitiibwa.

Ffenna twafuuka batali balongoofu era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde ekko. Ffenna tuwotookerera ne tukala ngʼekikoola, era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.

Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola, noolwekyo ebintu bino byonna byange?” bwʼayogera Mukama Katonda. “Ono ye muntu gwe ntunulako; oyo owʼeggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo, oyo akankanira ekigambo kyange.

Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe, mwajeemera Mukama Katonda wammwe, mwasinza bakatonda abalala, wansi wa buli muti oguyimiridde, era ne mutaŋŋondera,’ ” bwʼayogera Mukama.

Leka tugalamire, ngʼensonyi zitutta, nʼobuswavu bwaffe butuyitiridde kubanga twonoonye eri Mukama Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe, okuva mu buto bwaffe nʼokutuusa ku lunaku luno; kubanga tetugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”

Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe. Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?

Wuliriza, ggwe ensi: laba, ndeeta akabi ku bantu bano, byʼebibala byʼenkwe zaabwe, kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange nʼetteeka lyange baligaanye.

Nawuliriza nʼobwegendereza naye tebayogera mazima; tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze nʼokwebuuza nti, ‘Kiki kino kyenkoze?’ Buli muntu akwata kkubo lye ngʼembalaasi efubutuka ngʼetwalibwa mu lutalo.

Mukama nʼagamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange. Naye, bagoberedde obukakanyavu bwʼemitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.”

“Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama, baako kyʼokola olwʼerinnya lyo. Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi, tukwonoonye nnyo.

Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe era nʼobutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, kubanga ddala twayonoona gyʼoli.

Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona, ndokola nange nnaalokoka, kubanga ggwe gwe ntendereza.

Ndibawa omutima bammanye, nti nze Mukama. Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi nʼomutima gwabwe gwonna.

Olwʼokwagala kwa Mukama okutaggwaawo, tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; nʼobwesigwa bwo bwa lubeerera.

Emitima gyaffe tegikyasanyuka, nʼokuzina kwaffe kufuuse kukungubaga. Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe. Zitusanze kubanga twonoonye! Emitima gyaffe kyegivudde gizirika, era nʼamaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.

Buli kiramu, kyange; obulamu bwʼomuzadde nʼobwʼomwana bwonna nabwo bwange.

Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olwʼebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olwʼebibi ebyʼomwana we. Obutuukirivu bwʼomuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, nʼobutali butuukirivu bwʼoyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.’

“Naye omuntu atali mutuukirivu bwʼalikyuka nʼalekeraawo okukola ebibi byonna, nʼakuuma ebiragiro byange byonna nʼakola ebyʼensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa. Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olwʼebyʼobutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu. Mulowooza nga nsanyukira okufa kwʼatali mutuukirivu? Bwʼayogera Mukama. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ngʼakyuse okuva mu ngeri ze nʼaba omulamu?”

“Naye omuntu omutuukirivu bwʼalekeraawo okukola ebyʼobutuukirivu, nʼakola ebyʼekivve bye bimu nʼebyʼomuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo ebyʼobutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olwʼobutaba mwesigwa aliba nʼomusango, era nʼolwʼebibi bye yakola, alifa.”

“Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange yʼetali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya?

Omuntu omutuukirivu bwʼaleka okukola ebikolwa bye ebyʼobutuukirivu nʼakola ebibi, mwʼalifiira, kubanga ebibi byʼakoze bye birimuleetera okufa.

Naye bwʼalikyuka okuva mu butali butuukirivu bwe bwʼakoze, nʼakola ebyʼensonga era ebituufu, alirokola obulamu bwe. Era bwʼalirowooza ku bibi byonna byʼakoze, nʼakyuka nʼalekeraawo okubikola, mazima ddala aliba mulamu, talifa.

Naye oluvannyuma ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Mmwe ennyumba ya Isirayiri, engeri zange ze zitali za bwenkanya? Engeri zammwe si ze zitali za bwenkanya?

“Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ngʼebikolwa byammwe bwe biri, bwʼayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira. Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya nʼomwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri? Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bwʼayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu.”

Era eyo gye mulijjuukirira enneeyisa yammwe nʼebikolwa byammwe byonna bye mweyonoonyesa, era mulyetukuza olwʼebibi byonna bye mwakola.

Omuntu omutuukirivu bwʼalikyuka okuva mu butuukirivu bwe nʼakola ebibi, alifa olwʼebibi bye. Ate omukozi wʼebibi bwʼalikyuka okuleka obutali butuukirivu bwe nʼakola ebyalagirwa era ebituufu, aliba mulamu olwʼebyo byʼakoze.

Ndibamaansirako amazzi amayonjo, era ndibaggyako obutali bulongoofu bwammwe bwonna nʼokuva ku bakatonda abalala bonna, ne mbafuula abalongoofu. Ndibawa omutima omuggya era ne nteeka nʼomwoyo omuggya mu mmwe. Ndibaggyamu omutima ogwʼejjinja ne mbawa omutima ogwʼennyama.

Awo ne nkyukira Mukama Katonda ne nnoonya okubeerwa okuva gyali nga nsaba era nga neegayirira, nga nsiiba era nga nyambadde ebibukutu nga neesiize evvu. Ne nsaba Mukama Katonda wange ne mwatulira nti, “Ayi Mukama Katonda omukulu era owʼentiisa, akuuma endagaano ye so nʼokwagala kwo tekujjulukuka eri abo bonna abakwagala era abagondera ebiragiro byo, twonoonye era tusobezza, tukoze ebyʼekyejo nʼebyʼobujeemu, era tetwawuliriza baddu bo bannabbi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, nʼeri abalangira baffe, nʼeri bajjajjaffe, nʼeri abantu bonna abʼomu nsi.”

Ayi Mukama, ffe ne bakabaka baffe, nʼabalangira baffe, ne bajjajjaffe tuswadde kubanga twonoonye.

Mukama Katonda waffe ajjudde okusaasira nʼokusonyiwa, newaakubadde nga tumujeemedde, ne tutawuliriza ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, newaakubadde okukuuma amateeka ge, ge yatuwa ngʼayita mu baddu be bannabbi.

Awo bwe nnali nga njogera era nga nsaba, nga njatula ebibi byange nʼebibi byʼabantu bange Isirayiri, nga neegayirira Mukama Katonda wange ku lwʼolusozi lwe olutukuvu,

Bangi ku beebase mu nfuufu eyʼensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, nʼabalala eri ensonyi nʼokuswazibwa okutaggwaawo.

Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri. Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.

Mukama kyava agamba nti, “Mukomeewo gye ndi nʼomutima gwammwe gwonna. Mukomeewo nʼokusiiba nʼokukaaba awamu nʼokukungubaga.” “Muyuze emitima gyammwe so si byambalo byammwe. Mudde eri Mukama Katonda wammwe, kubanga ajjudde ekisa nʼokusaasira, era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo; nʼabandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.

Abantu bukadde na bukadde abali mu kiwonvu ekyʼokusalirwamu omusango! Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde lwaliramulirako mu kiwonvu ekyʼokusalirwamu omusango.

Abantu bʼomu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi. Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka wʼe Nineeve, nʼayimuka ku ntebe ye eyʼobwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, nʼatuula mu nfuufu. Kabaka teyakoma awo, wabula nʼayisa nʼetteeka nʼalibunya Nineeve yonna nga ligamba nti, Olwʼekiragiro kya kabaka nʼabakungu be: “Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana nʼekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi; naye buli muntu nʼekisibo bibikkibwe nʼebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona nʼokukola ebyʼobukambwe. Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira nʼakkakkanya obusungu bwe nʼatatuzikiriza.” Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka nʼebibi byabwe, nʼabasonyiwa nʼatabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.

Nnaagumikirizanga Mukama bwʼanaabanga ambonereza, kubanga nnyonoonye mu maaso ge, okutuusa lwʼalimpolereza, nʼanziza buggya. Alindeeta mu kitangaala, era ndiraba obutuukirivu bwe.

Katonda ki omulala ali nga ggwe, asonyiwa ekibi era nʼasonyiwa ebyonoono byabo abaasigalawo ku bantu be? Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna, naye asanyukira okusaasira. Alikyuka nʼatukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe, nʼasuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bwʼennyanja.

Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga yʼalirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”

“Mwenenye, kubanga obwakabaka obwʼomu ggulu bunaatera okutuuka.”

Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira byʼabuulira. Nʼababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.

Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi nʼAbasaddukaayo nga bajja okubatizibwa nʼabagamba nti, “Mmwe, abaana bʼessalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza.

Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala, gutemebwa gusuulibwe mu muliro, gugye.” “Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu nʼomuliro. Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”

Awo Yesu nʼava e Ggaliraaya nʼajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana. Naye Yokaana nʼayagala okugaana, nʼagamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gwʼojja gye ndi?” Yesu nʼamuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana nʼamukkiriza.

abantu abaatuulanga mu kizikiza, balabye Omusana mungi. Abaatuulanga mu nsi eyʼekisiikirize ekyʼokufa, omusana gubaakidde.” Okuva mu kiseera ekyo Yesu nʼatandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obwʼomu ggulu busembedde.”

“Balina omukisa abaavu mu mwoyo, kubanga abo Obwakabaka obwʼomu ggulu bwe bwabwe. Balina omukisa abali mu nnaku, kubanga abo balisanyusibwa. Balina omukisa abeetoowaze, kubanga abo balisikira ensi. Balina omukisa abalumwa enjala olwʼobutuukirivu kubanga abo balikkusibwa. Balina omukisa abʼekisa, kubanga abo balikwatirwa ekisa. Balina omukisa abalina omutima omulongoofu, kubanga abo baliraba Katonda. Balina omukisa abatabaganya, kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda. Balina omukisa abayigganyizibwa olwʼobutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obwʼomu ggulu bwe bwabwe.”

Ddala ddala mbagamba nti Eggulu nʼensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira. Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, nʼayigiriza nʼabalala okukola bwe batyo, yʼalisembayo mu bwakabaka obwʼomu ggulu. Naye mbalabula nti Okuggyako ngʼobutuukirivu bwammwe businga obwʼAbafalisaayo nʼobwʼabawandiisi, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.”

Noolwekyo obanga eriiso Lyo erya ddyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule wala. Kubanga kirungi okugenda mu ggulu ngʼebitundu byo ebimu tobirina okusinga okugenda nabyo byonna mu ggeyeena. Era obanga omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ebibi, kirungi okugutemako ogusuule wala. Okugenda mu ggulu ngʼekitundu kyʼomubiri gwo ekimu tokirina kisinga okugenda mu ggeyeena nʼebitundu byʼomubiri gwo byonna.

Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bwʼali Omutuukirivu.”

Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti, Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya Lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. Byʼoyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu. Tuwe emmere yaffe eya leero. Tusonyiwe ebyonoono byaffe nga naffe bwe tusonyiwa abatwonoona. Totuganya kukemebwa naye tulokole eri omubi.

“Kubanga bwe munaasonyiwanga ababasobezza, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga. Naye bwe mutaasonyiwenga bannammwe, nammwe Kitammwe ali mu ggulu taabasonyiwenga.”

“Eriiso yʼettabaaza yʼomubiri gwo, noolwekyo eriiso bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekitangaala ngʼekyʼomusana. Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabeeranga nʼekizikiza, noolwekyo ekizikiza ekyo kiba kikwafu nnyo!”

“Tewali nʼomu ayinza kuweereza baami babiri, kubanga alikyawako omu nʼayagala omulala oba aliwulirako omu nʼanyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona. ”

Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda nʼobutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako.

“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene nʼomulyango mugazi, nʼabalonda ekkubo eryo bangi. Kubanga omulyango mufunda, nʼekkubo eridda eri obulamu ffunda, era nʼabaliraba batono.”

Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi. Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, nʼomuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi. Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro. Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”

“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obwʼomu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala. Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga ebyʼobunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola nʼebyamagero bingi mu linnya lyo.’ Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”

Mulikyayibwa abantu bonna olwʼerinnya lyange. Naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero alirokolebwa.

Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo nʼomubiri mu ggeyeena.

“Buli muntu alinjatulira mu maaso gʼabantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. Na buli muntu alinneegaanira mu maaso gʼabantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

“Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga Nze tansaanira, nʼoyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga Nze naye tansaanira. Nʼoyo ateetikkenga musaalaba gwe nʼangoberera tansaanira. Omuntu ayagala ennyo obulamu bwe alibufiirwa, naye alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola.

Yesu nʼanenya nnyo ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga tebeenenya.

Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, nʼobwenzi, nʼobukaba, nʼobubbi, nʼokuwaayiriza, nʼokuvvoola.

Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye nʼafiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olwʼobulamu bwe?

Nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ngʼabaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obwʼomu ggulu.

Naye alyesitazza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”

Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ngʼogongobadde oba ngʼolemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ngʼolina emikono ebiri nʼebigere bibiri. Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ngʼolina eriiso limu okusinga okugenda mu muliro gwa ggeyeena ngʼolina amaaso go gombi.”

Awo Peetero nʼajja nʼabuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bwʼansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?” Yesu nʼamuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.”

“Kale ne Kitange ali mu ggulu bwʼatyo bwʼalibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”

Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olwʼerinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.

Mube nga Omwana wʼOmuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, nʼokuwaayo obulamu bwe okununula abangi.”

Kubanga Yokaana yajja ngʼabuulira ekkubo eryʼobutuukirivu naye ne mutamukkiriza. Wabula abasolooza bʼomusolo ne bamalaaya baamukkiriza, newaakubadde nga mwakiraba, oluvannyuma temwenenya kumukkiririzaamu.”

“Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, nʼalaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. Kabaka nʼamubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina kyʼaddamu. “Awo kabaka nʼalagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono nʼamagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba nʼokuluma obujiji.’ “Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.”

Yesu nʼaddamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼobulamu bwo bwonna, nʼamagezi go gonna.’ Eryo lyʼetteeka eryʼolubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. Nʼeryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’ Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”

Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa.

“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaananyizibwa nʼabawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. Abataano tebaalina magezi, abataano abalala ne baba bʼamagezi. Abataalina magezi, ne batatwala mafuta gamala mu ttaala zaabwe. Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe agʼokweyambisa wamu nʼettaala zaabwe. Naye anaawasa omugole bwe yalwawo okutuuka otulo ne tubakwata bonna, ne beebaka. “Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, ‘Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!’ “Abawala embeerera bonna ne bazuukuka ne baseesa ettaala zaabwe. Awo abawala abataano abataalina magezi ne bagamba nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe zaagala kuzikira ziggweerera.’ “Naye bannaabwe ne babaddamu nti, ‘Amafuta ge tulinawo gatumala bumazi. Mugende mu maduuka mwegulireyo.’ “Naye baali baakagenda anaawasa omugole nʼatuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo. Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, ‘Ssebo, tuggulirewo!’ Naye nʼabaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!’

“Omwana wʼOmuntu bwʼalijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe eyʼekitiibwa kye. Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ngʼomusumba bwʼayawulamu endiga nʼembuzi. Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo nʼembuzi ku gwa kkono. “Awo Kabaka nʼalyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kwʼensi. Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza, nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’ “Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala ne tukuliisa? Oba ngʼolina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? Oba ngʼoli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ngʼoli bwereere, ne tukwambaza? Twakulaba ddi ngʼoli mulwadde oba ngʼoli mu kkomera ne tukulambula?’ “Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’ “Bwʼatyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa, nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’ “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala oba ngʼoli muyonta, oba ngʼoli mugenyi oba ngʼoli bwereere oba mulwadde oba ngʼoli mu kkomera, ne tutakuyamba?’ “Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’ “Abo baligenda ku kibonerezo ekyʼemirembe nʼemirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”

kubanga guno gwe musaayi gwange ogwʼendagaano oguyiika ku lwʼabantu abangi, olwʼokusonyiyibwa ebibi.

Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”

Awo Yesu ne yeeyongera okwogerera waggulu nʼeddoboozi eddene, nʼawaayo omwoyo gwe. Era laba! Eggigi lyʼomu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi nʼekankana, nʼenjazi ne zaatika.

Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu.

Yokaana yajja ngʼabatiriza mu ddungu, ngʼabuulira okubatiza okwʼokwenenya olwʼokusonyiyibwa ebibi. Ensi yonna eyʼe Buyudaaya nʼabantu bonna abʼomu Yerusaalemi, ne bagendanga gyʼali, nʼababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe.

ngʼagamba nti, “Ekiseera kituukiridde, nʼobwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.”

Era bwe mutuukanga mu kifo ne batabaaniriza yadde okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo mukunkumuliranga mu kifo omwo enfuufu eyʼomu bigere byammwe, okuba akabonero gye bali.” Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.”

Era nʼayongerako na bino nti, “Ebirowoozo byʼomuntu bye bimwonoona. Kubanga mu mutima gwʼomuntu mwe muva ebirowoozo ebibi ebyʼobukaba, nʼobubbi, nʼobutemu, nʼobwenzi, nʼokwegomba, nʼomutima omubi, nʼobukuusa, nʼobumenyi bwʼamateeka, nʼobuggya, nʼokusekeeterera, nʼobusirusiru. Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona.”

Awo Yesu nʼayita ekibiina wamu nʼabayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Obanga waliwo omuntu ayagala okungoberera, asaanidde okwefiiriza asitule omusaalaba gwe alyoke angoberere. Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Naye oyo awaayo obulamu bwe ku lwange ne ku lwʼEnjiri alibuwonya. Kale omuntu agasibwa ki singa alya ensi yonna, naye nʼafiirwa obulamu bwe? Omuntu ayinza kuweebwa ki, akiwanyise olwʼobulamu bwe?

Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, nʼebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana wʼOmuntu alimukwatirwa ensonyi bwʼalijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”

Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Okuba nʼomukono ogumu nʼoyingira mu bulamu kisinga okuba nʼemikono ebiri nʼolaga mu ggeyeena, envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira.

Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema nʼoyingira mu bulamu kisinga okuba nʼebigere ebibiri nʼolaga mu ggeyeena envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira.

Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ngʼoli wa liiso limu okusinga okubeera nʼamaaso go gombi, nʼosuulibwa mu ggeyeena, envunyu gye zitafa nʼomuliro gye gutazikira.

Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ngʼomwana omuto, tagenda kubuyingira nʼakatono.”

Nange kennyini, Kristo, sajja ku nsi kuweerezebwa, wabula Nze okuyamba abalala, era nʼokuwaayo obulamu bwange ngʼomutango okununula abangi.”

Bwe mubanga mugenda okusaba musonyiwenga omuntu yenna gwe mulinako ensonga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ebyonoono byammwe.

Naye bwe mutaasonyiwenga, ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa byonoono byammwe.”

Mulikyayibwa abantu bonna, olwʼerinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero yʼalirokolebwa.”

Nʼabagamba nti, “Guno musaayi gwange ogwʼendagaano, oguyiika ku lwʼabangi.

Nʼasaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gyʼoli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bwʼoyagala.”

Mutunule musabe, muleme kukemebwa. Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”

Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga.

Nʼokusaasira kwe kwa mirembe na mirembe eri abo abamutya.

mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ezʼobulamu bwaffe.”

Okumanyisa abantu be obulokozi, obwʼokusonyiyibwa ebibi byabwe.

Yokaana nʼatambulanga ngʼagenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ngʼategeeza abantu obubaka obwʼokubatizibwa obwʼokwenenya olwʼokusonyiyibwa ebibi,

Kyeyava agamba abantu abajjanga gyʼali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana bʼemisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu. Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo kyʼemiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”

Awo abasolooza bʼomusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”

Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu nʼabatizibwa. Yesu nʼasaba, eggulu ne libikkuka,

“Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, nʼabazibe bʼamaaso okuzibulwa amaaso balabe, nʼabanyigirizibwa okufuna eddembe,

Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, nʼafukamira mu maaso ga Yesu nʼamugamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo.”

Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bwʼali owʼekisa.” “Temusalanga musango, nammwe muleme kusalirwa. Temusingisanga musango, nammwe muleme okusingibwa. Musonyiwenga era nammwe mulisonyiyibwa.

Naye Abafalisaayo nʼabayigiriza bʼamateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.

Tewansiize mafuta ku mutwe gwange, naye ye asiize ebigere byange amafuta agʼakaloosa. Noolwekyo nkutegeeza nti Omukazi ono asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi, naye oyo asonyiyibwa ebitono nʼokwagala kwe kuba kutono.” Awo Yesu nʼagamba omukazi nti, “Osonyiyiddwa ebibi byo.”

Era bonna nʼabagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere! Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe, alibufiirwa. Na buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibulokola. Kubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye nʼafiirwa obulamu bwe?

Buli alinkwatirwa ensonyi, nze nʼebigambo byange, nʼOmwana wʼOmuntu, alimukwatirwa ensonyi, bwʼalijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.

Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate nʼatunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda.”

Nʼabagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti, ‘Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe, obwakabaka bwo bujje. Otuwenga buli lunaku emmere yaffe eyʼolunaku. Era otusonyiwe ebyonoono byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatukolako ebisobyo. So totutwala mu kukemebwa.’ ”

“Era mbategeeza nti Buli anjatula mu maaso gʼabantu, nʼOmwana wʼOmuntu, alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda. Naye oyo anneegaanira mu maaso gʼabantu, nʼOmwana wʼOmuntu alimwegaanira mu maaso ga bamalayika ba Katonda.

Yesu nʼabagamba nti, “Mulowooza nti Abagaliraaya abo baali boonoonyi nnyo okusinga Abagaliraaya abalala bonna, balyoke baboneebone batyo? Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe mugenda kuzikirira ngʼabo bwe baazikirira. Ate bali ekkumi nʼomunaana omunaala gwa Sirowamu be gwagwako, ne gubatta, mulowooza be baali basinga obwonoonyi okusinga abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi bonna? Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe bwe mugenda okuzikirira bwe mutyo.”

Mu ngeri yʼemu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olwʼomwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”

Mbategeeza nti Mu ngeri yʼemu omukozi wʼebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”

Awo Yesu nʼabagamba nti, “Waaliwo omusajja eyalina batabani be babiri. Omuto nʼagamba kitaawe nti, ‘Kitange, nkusaba ompe omugabo gwange ku bintu byo ogunsaanidde.’ Kitaawe nʼabagabanyiza ebintu byabwe. “Waayitawo ennaku ntono, omwana omuto nʼasibako ebintu bye byonna ne yeetambulira, nʼagenda mu nsi eyʼewala. Bwe yatuuka eyo nʼasaasaanya ebintu bye ne yeemalira mu binyumu. Mu kiseera ekyo we yamalirawo ebintu bye byonna, nʼenjala nnyingi we yagwira mu nsi omwo mwe yali, nʼasiibanga era nʼasulanga enjala. Nʼagenda abeere ewʼomwami omu owʼomu nsi omwo nʼamusaba amuwe omulimu, nʼamusindika gye yalundiranga embizzi azirabirirenga. Omulenzi ne yeegombanga okulyanga ebikuta byʼembizzi, naye ne watabaawo amuwa kantu konna. “Naye bwe yeddamu nʼagamba nti, ‘Eka ewaffe, abasajja abapakasi aba kitange bafuna emmere nnyingi ne balya ne balemwa, naye nze ndi wano nfiira wano enjala! Nnaagenda eri kitange, mugambe nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go, era sikyasaanira na kuyitibwa mwana wo. Nfunira omulimu mbeere ngʼabapakasi bo.’ “Bwʼatyo nʼasitula nʼaddayo ewa kitaawe. Naye bwe yali ngʼakyaliko wala nʼawaka, kitaawe nʼamulengera ngʼajja, nʼamusaasira nnyo. Kitaawe ngʼajjudde amaziga nʼamusisinkana, nʼamugwa mu kifuba nʼamunywegera. Omwana nʼagamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’ “Naye kitaawe nʼalagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze nʼengatto! Era mugende mutte ennyana eya ssava. Tufumbe embaga nnene tujaguze. Kubanga mutabani wange ono yali afudde kaakano mulamu, yali azaaye laba wuuno azaawuse.’ Embaga nʼetandika. “Mu kiseera ekyo omwana omukulu yali ali mu nnimiro. Awo bwe yali akomawo eka ngʼasemberedde ennyumba, nʼawulira ennyimba ezʼamazina. Nʼayita omu ku baweereza nʼamubuuza bwe bibadde. Omuweereza nʼamutegeeza nti, ‘Muganda wo akomyewo, era kitammwe amuttidde ennyana eya ssava olwokubanga muganda wo akomyewo nga mulamu bulungi.’ “Muganda we omukulu nʼanyiiga, nʼokuyingira nʼatayingira mu nnyumba. Naye kitaawe nʼajja nʼamwegayirira ayingire, naye omwana nʼamuddamu nti, ‘Emyaka gino gyonna nkukoledde, era tewali mulundi na gumu Lwe wali ondagidde ne nkujeemera. Naye tompangayo wadde akabuzi akato neesanyuseeko ne mikwano gyange. Naye kale mutabani wo olukomyewo ngʼebintu byo bye wamuwa amaze okubimalira mu bamalaaya, nʼomuttira ennyana ensava.’ “Kitaawe nʼamuddamu nti, ‘Laba mwana wange, tuli ffenna bulijjo, era byonna bye nnina bibyo. Kaakano kituufu okusanyuka nʼokujaguza. Kubanga muganda wo, yali afudde, kaakano mulamu! Yali azaaye, wuuno azaawuse!’ ”

“Omugagga nʼaddamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ngʼava mu bafu, bajja kwenenya.’ “Awo Ibulayimu nʼamugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’ ”

Mwekuume. “Muganda wo bwʼayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga. Ne bwʼakusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi nʼajja gyʼoli nʼakwenenyeza, musonyiwenga.”

“Naye omuwooza nʼayimirira wala nʼatasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ngʼasaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ngʼasaba nti ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’

Kubanga Omwana wʼOmuntu, yajjirira kunoonya nʼokulokola abaabula.”

Ate nʼatoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, nʼagumenyaamenyamu, nʼabagabira ngʼagamba nti, “Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe muti nga munzijukira.” Bwe baamala okulya ekyekiro, nʼaddira nate ekikompe era mu ngeri yʼemu nʼakibakwasa ngʼagamba nti, “Ekikompe kino ke kabonero akʼendagaano ya Katonda empya ekakasibwa mu musaayi gwange oguyiyibwa ku lwammwe.

Bwe yatuuka eyo nʼagamba abayigirizwa be nti, “Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa.”

“Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula kyʼoyagala kye kiba kikolebwa.”

Omu ku bamenyi bʼamateeka abaakomererwa naye nʼavuma Yesu ngʼagamba nti, “Si ggwe Kristo? Kale weerokole era naffe otulokole.” Naye munne bwe baakomererwa nʼamunenya, nʼamugamba nti, “Nʼokutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna kyʼakoze.” Nʼalyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bwʼolijja mu bwakabaka bwo.” Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti Olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”

Nʼabagamba nti, “Kyawandiikibwa dda nnyo nti Kristo kimugwanira okubonaabona, nʼokufa era ku lunaku olwokusatu azuukire mu bafu. Era mu linnya lye Enjiri eyʼokwenenya nʼokusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi.

Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kwʼomubiri, wadde okwagala kwʼomuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda.

Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza nʼalaba Yesu ngʼajja, nʼagamba nti, “Mulabe Omwana gwʼEndiga owa Katonda aggyawo ebibi byʼensi.

Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bwʼatazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”

Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ngʼomuntu azaaliddwa amazzi nʼOmwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, nʼekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. Noolwekyo teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri.

Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo nʼOmwana wʼOmuntu kimugwanira okuwanikibwa, buli amukkiriza alyoke afune obulamu obutaggwaawo. “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya lyʼOmwana oyo omu yekka owa Katonda. Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa. Naye buli ajja eri omusana akola ebyʼamazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”

Oluvannyuma lwʼebyo Yesu nʼabayigirizwa be ne bajja mu nsi yʼe Buyudaaya, nʼabeera eyo nabo, era nʼabatiza.

Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”

Kubanga Katonda Mwoyo nʼabo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.”

Oluvannyuma lwʼebyo Yesu nʼamulaba mu Yeekaalu, nʼamugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.”

“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, nʼakkiriza eyantuma, aba nʼobulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ngʼatuuse mu bulamu.

“Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.

Buli muntu Kitange gwʼampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru.

Kubanga Kitange kyʼayagala kye kino nti buli alaba Omwana we nʼamukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olwʼenkomerero.”

Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olwʼenkomerero. Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gwʼayigiriza nʼategeera amazima ajja gye ndi.

“Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba nʼobulamu obutaggwaawo!

Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bwʼalya ku mmere eno aliba mulamu emirembe nʼemirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”

Yesu nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa nʼomusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe. Buli alya omubiri gwange nʼanywa nʼomusaayi gwange, ngʼafunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olwʼenkomerero. Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala nʼomusaayi gwange kye kyokunywa ddala. Oyo alya ku mubiri gwange era nʼanywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye. Nga Kitange eyantuma bwʼali omulamu, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, noolwekyo oyo alya ku nze naye aliba mulamu ku bwange. Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ngʼeyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe nʼemirembe.”

Awo Yesu nʼayongera okwogera nʼekibiina, nʼagamba nti, “Nze Musana gwʼensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga nʼomusana ogwʼobulamu.”

Kyenvudde mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti Nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”

Awo Yesu nʼagamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala. Era mulitegeera amazima, nʼamazima galibafuula ba ddembe.”

Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola byʼayagala.

Nnina nʼendiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba nʼomusumba omu.

Naye mmwe temunzikiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera. Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali nʼomu ayinza kuzisikula mu mikono gyange,

Yesu nʼamugamba nti, “Nze kuzuukira nʼobulamu; akkiriza nze newaakubadde ngʼafudde, aliba mulamu, na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe nʼemirembe. Ekyo okikkiriza?” Maliza nʼamugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti Ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”

Buli eyeemalira ku bulamu bwe alibufiirwa, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno, alibusigaza mu bulamu obutaggwaawo.

Era waaliwo bangi ne mu bakulembeze bʼAbayudaaya abaamukkiriza. Naye olwʼokutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro. Kubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.

Nze omusana nzize mu nsi buli anzikiriza aleme okusigala mu kizikiza.

Kyokka buli agaana Nze era nʼagaana nʼebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olwʼenkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza.

Yesu nʼaddamu nti, “Nze kkubo, nʼamazima nʼobulamu. Tewali nʼomu ajja eri Kitange wabula ngʼayita mu Nze.

“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange,

Kye mbalagira kye kino nti Mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala. Tewali kwagala kusinga okwʼomuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.

Ye bwʼalijja, alirumiriza ensi olwʼekibi, nʼolwʼobutuukirivu nʼolwʼomusango, kubanga tebanzikkiriza, olwʼobutuukirivu kubanga ŋŋenda eri Kitange era temukyandaba, nʼolwʼomusango, kubanga omufuzi wʼensi eno asaliddwa omusango.

Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima.

Yesu nʼamugamba nti, “Okkirizza kubanga ondabye. Balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.” Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ngʼabayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino. Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olwʼokumukkiriza mulyoke mube nʼobulamu mu linnya lye.

Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama, alirokolebwa.’ ”

Peetero nʼabagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu.

Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ngʼenkumi ssatu. Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kwʼabatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba.

Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe,

Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi wʼeggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”

Oyo Katonda nʼamugulumiza okubeera Omulangira era Omulokozi, abeerenga ku mukono gwe ogwa ddyo, okuwa Isirayiri omukisa ogwʼokwenenya nʼokusonyiyibwa ebibi.

Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ngʼabuulira ku bwakabaka bwa Katonda nʼerinnya lya Yesu Kristo abasajja nʼabakazi ne babatizibwa. Awo ne Simooni yennyini nʼakkiriza era nʼabatizibwa, nʼagobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni nʼabyewuunya nnyo.

Noolwekyo weenenye ekikolwa ekyo ekibi weegayirire Mukama, oboolyawo Katonda ayinza okukusonyiwa ebirowoozo byo ebyo ebibi.

Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe nʼagamba nti “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?” Awo Firipo nʼamugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bwʼoba ngʼokkiriza nʼomutima gwo gwonna.” Omulaawe nʼaddamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.”

Amangwago ebintu ebyali ngʼamagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo nʼasobola okulaba, nʼayimirira nʼabatizibwa.

Awo Peetero nʼagamba nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu, wabula ayaniriza abantu bonna abʼomu mawanga gonna kasita baba nga bamutya era nga bakola byʼasiima.

Nʼatutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu yʼoyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi wʼabantu bonna, abalamu nʼabafu. Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti Buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”

Bwʼatyo nʼalagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Ne basaba Peetero agira abeera nabo okumala ennaku ntonotono.

Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, nʼAbamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gyʼali abawe obulamu obutaggwaawo.”

“Mu zzadde lye, Katonda mwe yalonda Omulokozi, ye Yesu, nga bwe yasuubiza Isirayiri. Naye nga tannajja, Yokaana yabuulira abantu bonna mu Isirayiri okubatizibwa okwʼokwenenya.

“Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa. Buli amukkiriza nʼamwesiga aggyibwako omusango gwʼekibi, nʼaweebwa obutuukirivu.

ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.”

Awo nʼabafulumya, nʼababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?” Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe nʼennyumba yo yonna.” Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye nʼabʼomu maka ge bonna. Mu kiseera ekyo kyennyini nʼabatwala nʼabanaaza ebiwundu. Era ye nʼabʼomu maka ge bonna ne babatizibwa.

Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bwʼomuntu ku bintu ngʼebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya. Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lwʼalisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”

Kulisupo, eyali omukulu wʼekkuŋŋaaniro, nʼennyumba ye yonna, ne bakkiriza Mukama waffe, nʼabalala bangi ku Bakkolinso abaawulira ne bakkiriza era ne babatizibwa.

Awo Pawulo nʼabagamba nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okwʼokwenenya eri abantu ngʼagamba nti Agenda okujja oluvannyuma lwe bamukkirize. Kino kitegeeza nti ye Yesu.” Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu.

Bangi mu abo abakkiriza ne beenenya ebibi byabwe mu lwatu ne baatula nʼebikolwa byabwe.

nga ntegeeza Abayudaaya nʼAbayonaani okwenenya badde eri Katonda, nʼokuba nʼokukkiriza mu Mukama waffe Yesu.

Mwekumenga era mukuumenga nʼekisibo kyonna Mwoyo Mutukuvu mwe yabateeka okuba abalabirizi okulabiriranga Ekkanisa ya Katonda gye yeegulira nʼomusaayi gwe.

Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bwʼoyatudde erinnya lye.’

okuzibula amaaso gaabwe bakyuke bave mu kizikiza badde eri omusana, nʼokuva mu buyinza bwa Setaani, badde eri Katonda balyoke basonyiyibwe ebibi bafunire wamu omugabo gwa Katonda nʼabo abatukuzibwa olwʼokunzikiriza.’

“Noolwekyo mumanye nti Obulokozi obuva eri Katonda buweereddwa Abaamawanga era bajja kubuwuliriza.”

Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya nʼeri Omunnamawanga.

Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera nʼomutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana. Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, nʼebibi, nʼomululu, nʼobukyayi, nʼobuggya, nʼobussi, nʼentalo, nʼobulimba, nʼenkwe, nʼokwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo, era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala nʼokwekulumbaza, nga bagunjawo enkola yʼebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe. Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira. Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti Abantu abakola ebintu ngʼebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima nʼabo ababikola.

Naye kaakano, tumanyi nga Katonda mutuufu okunenya abo abakola ebiri ngʼebyo. Naye ggwe omuntu obuntu, akola ebiri ngʼebyo, kyokka nʼonenya abantu abalala, olowooza nga Katonda alikuleka? Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, nʼokugumiikiriza kwe nʼobukwatampola bwe? Tomanyi ngʼekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya? Naye olwʼobukakanyavu bwo nʼomutima oguteenenya, weeterekera ekiruyi ku lunaku lwʼekiruyi nʼokubikkulirwa, Katonda lwʼalisalirako omusango ogwʼobutuukirivu. Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye. Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi eryʼokuweebwa ekitiibwa, ettendo nʼobulamu obwʼemirembe nʼemirembe. Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu. Walibaawo ennaku nʼokubonaabona ku buli mmeeme yʼomuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya nʼoluvannyuma ku Munnaggwanga. Naye ekitiibwa nʼettendo nʼemirembe biriba ku buli akola ebituufu, okusookera ku Muyudaaya nʼoluvannyuma ku Munnaggwanga. Kubanga Katonda tasosola mu bantu.

Kino kiribaawo ku lunaku Katonda kwʼaliramulira abantu olwʼebyo bye baakisa, ngʼenjiri yange bwʼeri ku bwa Yesu Kristo.

Ngʼebyawandiikibwa bwe bigamba nti: “Tewali mutuukirivu nʼomu. Tewali ategeera wadde anoonya Katonda.

“Nʼokutya tebatya Katonda.” Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lwʼabo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ngʼensi yonna bwe yasobya.

Kubanga tewali nʼomu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olwʼebikolwa byʼamateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.

Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda. Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olwʼekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo; Katonda yaweereza Kristo okuba omutango, bwe tukkiriza Kristo olwʼomusaayi gwe yayiwa. Alaga obutuukirivu bwe mu kugumiikiriza ebibi ebyakolebwa edda, be bantu abaayonoona mu biseera biri ebyʼedda.

Noolwekyo omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kugoberera mateeka.

“Baweereddwa omukisa, abasonyiyiddwa ebyonoono byabwe, ne baggyibwako ebibi byabwe.

Kristo yaweebwayo okuttibwa olwʼebibi byaffe, nʼazuukizibwa tulyoke tuweebwe obutuukirivu.

Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olwʼokukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo, era olwʼokukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera, era mwe twenyumiririza, nga tusuubira ekitiibwa kya Katonda. Tetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ngʼokubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza. Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, nʼembala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi. Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.

Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo nʼatufiirira. Kale obanga twaweebwa obutuukirivu olwʼomusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda. Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kwʼOmwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olwʼobulamu bwe? So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.

Amateeka gaatekebwawo, amaanyi gʼekibi galyoke galabisibwe. Kyokka ekibi bwe kyeyongera, ekisa kya Katonda kyo ne kyeyongera nnyo okusingawo. Ngʼekibi bwe kyafugira mu kufa, nʼekisa kya Katonda kifugira mu butuukirivu ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola? Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye?

Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olwʼekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya. Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi ekyʼokufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. Tumanyi kino nti omuntu waffe owʼedda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gwʼekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. Omuntu bwʼafa aba takyafugibwa kibi.

Omuntu bwʼafa aba takyafugibwa kibi. Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda. Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.

Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo. Temuwangayo bitundu byammwe ebyʼomubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ngʼabantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe ebyʼomubiri gwammwe bikozesebwe ebyʼobutuukirivu eri Katonda. Temukkiriza kibi kwongera kubafuga, kubanga temukyafugibwa mateeka, wabula ekisa kya Katonda.

Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa nʼomutima gwammwe gwonna, ne mukugondera. Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda. Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe ebyʼomubiri okuba abaddu bʼebirowoozo ebyʼobugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe ebyʼomubiri okuba abaddu bʼobutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu.

Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, nʼenkomerero bwe bulamu obutaggwaawo. Empeera yʼekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Kubanga bwe twali tukyafugibwa omubiri, okwegomba kwʼebibi kwakoleranga mu bitundu byaffe ebyʼomubiri olwʼamateeka, era enkomerero kwali kufa. Naye kaakano tetukyafugibwa mateeka. Tuli bafu eri ebyo ebyali bitusibye, era tebitulinaako buyinza. Noolwekyo tuyinza okuweereza Katonda mu ngeri empya eya Mwoyo Mutukuvu, so si mu nkola enkadde eyʼamateeka.

Ekibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu.

Tumanyi ngʼamateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ngʼomuddu nfugibwe ekibi. Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola. Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ngʼamateeka malungi. Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze. Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi nʼakamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola. Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola. Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.

Noolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi. Mu nze mu muntu owʼomunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda. Naye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka agʼenjawulo nga gawakana nʼetteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe wʼamateeka agʼekibi, ekikolera mu mubiri gwange. Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa? Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe. Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu wʼamateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ngʼokwegomba kwange okwʼomubiri, mpeereza etteeka lyʼekibi.

Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okwʼomubiri wabula ne bagoberera Omwoyo. Kubanga etteeka eryʼOmwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka lyʼekibi nʼokufa. Amateeka ga Musa kye gataayinza kukola, olwʼokunafuyizibwa omubiri, Katonda yakikola mu Mwana we yennyini bwe yamutuma mu kifaananyi kyʼomubiri ogwʼekibi, nʼasalira ekibi omusango mu mubiri. Ekyo kyabaawo, ebyʼobutuukirivu mu mateeka biryoke bituukirire mu ffe bwe tugondera Omwoyo, ffe abatatambulira mu mubiri naye abatambulira mu Mwoyo. Abo abalowooleza mu mubiri balowooza bintu bya mubiri, naye abalowooleza mu Mwoyo balowooza bya Mwoyo. Okulowooleza mu byʼomubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu nʼemirembe. Kubanga okulowooza ebyʼomubiri kya bulabe eri Katonda. Ebirowoozo ebyʼomubiri tebiyinza kuwulira mateeka ga Katonda. Nʼabo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda.

Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bwʼataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo. Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olwʼekibi, ate ngʼomwoyo gwammwe mulamu olwʼobutuukirivu. Era obanga Omwoyo wʼoyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu abeera mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo mu bafu, alifuula emibiri gyammwe egifa okuba emiramu ku bwʼOmwoyo we abeera mu mmwe.

Noolwekyo abooluganda tulina ebbanja, so si eri omubiri okugondera bye gutulagira. Kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa. Naye bwe munnatta ebikolwa ebyʼomubiri, muliba balamu, kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda. Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bwʼoyo tumukoowoola nti Aba, Kitaffe. Omwoyo yennyini akakasiza wamu nʼomwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda. Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.

Okubonaabona kwe tubonaabona kaakano kutono nnyo bwe kugeraageranyizibwa nʼekitiibwa ekiritubikulirwa. Ebitonde birindirira nʼessuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa.

Oyo ataasaasira Mwana we ye, naye nʼamuwaayo ku lwaffe ffenna, talituwa buwi bintu byonna awamu naye? Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda yʼawa obutuukirivu. Ani alibasalira omusango? Kristo Yesu yafa, kyokka okusinga byonna yazuukizibwa, era ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼatwegayiririra. Ani alitwawukanya nʼokwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwerere, oba kabi, oba kitala? Kyawandiikibwa nti: “Ku lulwo tutiisibwatiisibwa nʼokuttibwa obudde okuziba, era tubalibwa ngʼendiga ezʼokusalibwa.” Naye mu bino byonna tuwangudde nʼokukirawo ku bwʼoyo eyatwagala.

Agamba Musa nti, “Ndisaasira oyo gwe ndisaasira, era ndikwatirwa ekisa oyo gwe ndikwatirwa ekisa.” Noolwekyo tekiva ku ebyo omuntu byʼayagala newaakubadde byʼakola, wabula ku kusaasira kwa Katonda.

Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo kyʼokugondera obutuukirivu bwa Katonda. Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza nʼamuwa obutuukirivu.

Bwʼoyatula nʼakamwa ko nti, Yesu ye Mukama, nʼokkiriza nʼomutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka. Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe nʼaweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke nʼalokoka. Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe yʼomu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.

Noolwekyo okukkiriza kujja olwʼokuwulira ekigambo kya Kristo.

Naye Katonda yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Neesigalizzaawo abasajja kasanvu abatafukaamirira Baali.” Era bwe kityo ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyasigalawo abaalondebwamu olwʼekisa.

Kuba obanga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, nammwe ayinza obutabasaasira. Kale mufumiitirize ku kisa nʼobukambwe bwa Katonda. Aba mukambwe eri abo abaagwa, naye nʼaba wa kisa eri ggwe, bwe weeyongera okunywerera mu kisa kye, kubanga naawe bwʼotonywere oliwogolwako.

Era eyo ye ndagaano yange nabo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”

Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olwʼokusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okwʼomwoyo. So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olwʼokudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okwʼamazima.

Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ngʼokola obulungi.

Mumanye nga kino kye kiseera, era essaawa etuuse mugolokoke okuva mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne we twakkiririza.

naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ngʼokwegomba kwagwo bwe kuli.

Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso gʼentebe ya Katonda, eyʼokulamula. Kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bwʼayogera Mukama, ‘buli vviivi lirinfukaamirira era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ” Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.

Kaakano Katonda wʼokusuubira, abajjuze essanyu lyonna nʼemirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi eryʼamaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.

Era oyo yʼalibanyweza ku nkomerero, nga temuliiko kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.

Ekigambo kyʼomusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda.

waleme kubaawo muntu nʼomu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda. Kyokka ku bwʼoyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, nʼokutukuzibwa, nʼokununulibwa,

Temumanyi nti Mmwe muli Yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.

Naye kaakano mbawandiikira nga mbategeeza nti Mwewale omuntu yenna ayitibwa owooluganda ngʼate mwenzi, owoomululu, asinza bakatonda abalala, oba omuvumi, oba omutamiivu oba omukumpanya. Abʼengeri eyo nʼokulya temulyanga nabo. Kale nze nfaayo ki okusalira abʼebweru omusango? Lwaki sisalira abo abali mu mmwe? Naye abʼebweru Katonda ye abasalira. Omubi oyo ali mu mmwe mumuggyeemu.

Oba temumanyi ngʼabatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ngʼabakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga, newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo nʼOmwoyo wa Katonda waffe.

Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu kyʼakola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini. Oba temumanyi ngʼomubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era nʼemibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.

Kubanga okukomolebwa si kintu era obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwata amateeka ga Katonda.

Mwagulibwa na muwendo noolwekyo temufuukanga baddu ba bantu.

Tetusaana kubeera benzi ngʼabamu ku bo bwe baali, abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu ku bo ne bafa mu lunaku lumu. Era tetusaana kukema Kristo ngʼabamu ku bo bwe baakola, emisota ne gibazikiriza. Era temwemulugunyanga ngʼabamu ku bo bwe baakola, ne battibwa omuzikiriza. Ebyo byonna byabatuukako ngʼekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olwʼokutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero. Kale alowooza ngʼayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa.

Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, nʼabalaga nʼekkubo eryʼokubiwangula.

Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.

Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olwʼebibi byaffe, ngʼEbyawandiikibwa bwe bigamba, era nti Yaziikibwa, nʼazuukizibwa ku lunaku olwokusatu ngʼEbyawandiikibwa bwe bigamba,

Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” Mweddemu, mutambulirenga mu butuukirivu mulekeraawo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi.

Obuyinza obulumya buva mu kibi, nʼamaanyi gʼekibi gava mu mateeka.

Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. Katonda wʼemirembe gino yazibikira ebirowoozo byʼabo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri eyʼekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda.

nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe. Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe.

Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okwʼekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa ekyʼamaanyi ekyʼemirembe nʼemirembe. Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.

Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso gʼentebe ya Kristo eyʼokusalirako omusango, buli muntu asalirwe olwʼebyo bye yakola ngʼakyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi.

Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bwʼoyo eyabafiirira era nʼazuukira,

Noolwekyo omuntu yenna bwʼabeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; ebyʼedda nga bigenze, laba ngʼafuuse muggya.

Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda. Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.

Kubanga agamba nti, “Nakuwulira mu biro ebituufu, era ne nkuyamba ku lunaku olwʼobulokozi.” Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olwʼobulokozi.

Temwegattanga wamu nʼabatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati wʼobutuukirivu nʼobujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati wʼekitangaala nʼekizikiza?

“Noolwekyo muve wakati mu bo, mubeeyawuleko, bwʼayogera Mukama. Temukwata ku bitali birongoofu, nange nnaabaaniriza.” “Nʼabeeranga Kitammwe, nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,” bwʼayogera Mukama Ayinzabyonna.

Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ngʼebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri nʼomwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.

Kaakano nnina essanyu, si lwa kubanga yabanakuwaza, naye lwa kubanga mwanakuwalira ekibi ne mwenenya, ne Katonda nʼalaba okunakuwala kwammwe muleme okufiirwa ekigambo kyonna ku lwaffe. Kubanga okunakuwala okwʼokwenenya eri Katonda kuleeta obulokozi, era tekuleeta kwejjusa; naye okunakuwala okwʼensi kuleeta kufa. Kubanga laba okunakuwala okwo Katonda kwʼasiima kwabaleetera okwewala bino: okufuba ennyo, nʼokwennyonnyolako, nʼokusunguwala, nʼokutya, nʼokwegomba, nʼokufuba ennyo okwenenya, nʼokuwalana eggwanga. Mwakola kyonna kye musobola okulongoosa ekyasoba.

Olwʼobukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olwʼokugonda okwʼokwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, nʼeri abantu bonna,

Kubanga kye ntya oboolyawo kwe kubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; oboolyawo nga waliwo okuyomba, nʼobuggya, nʼobusungu, nʼokwawukana, nʼokugeyaŋŋana, nʼolugambo, nʼokwekuluntaza, nʼokutabukatabuka; bwe ndijja nate, Katonda wange aleme kuntoowaza mu maaso gammwe, ne nkaabira abo bonna abaayonoona edda, ne bateenenya obutali bulongoofu, nʼobwenzi, nʼobugwagwa bye baakola.

Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa.

Kyokka tukimanyi bulungi nti Omuntu taweebwa butuukirivu lwa kugondera mateeka, wabula abufuna lwa kukkiriza Yesu Kristo, era naffe kyetwava tukkiriza Yesu Kristo tulyoke tuweebwe obutuukirivu olwʼokumukkiriza so si lwa kugondera mateeka. Kubanga tewali nʼomu aliweebwa obutuukirivu olwʼebikolwa ebyʼamateeka.

kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.

Kristo yatununula okuva mu kikolimo kyʼamateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.”

ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olwʼokumukkiriza.

kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo.

Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda nʼatuma Omwana we eyazaalibwa omukazi ngʼafugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana.

Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. Kubanga okwegomba kwʼomubiri kulwanagana nʼOmwoyo, nʼOmwoyo nʼalwanagana nʼomubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala. Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka.

Ebikolwa byʼomubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, nʼebirala ebiri ngʼebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti Buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

Naye ebibala ebyʼOmwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, Obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.

Nʼabo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri nʼokwegomba kwagwo, nʼomululu gwagwo. Kale bwe tuba abalamu ku bwʼOmwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kwʼOmwoyo.

Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu kyʼasiga era kyʼalikungula. Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.

Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kye kitonde ekiggya.

Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogwʼomwoyo oguva mu ggulu. Yatulonda okubeera mu Kristo ngʼensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kyʼakunenyezebwa mu maaso ge, olwʼokwagala kwe. Olwʼokwagala kwe, yatuteekateeka tubeere abaana be mu Yesu Kristo, ngʼokusiima kwe bwe kuli. Katonda tumutendereze olwʼekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gwʼayagala ennyo. Mu oyo mwe tununulibwa olwʼomusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ngʼobugagga bwʼekisa kye bwe buli, kye yatuwa mu bungi mu magezi gonna ne mu kutegeera kwonna.

Era mu ye mwe twaweerwa obusika ne twawulibwa ngʼenteekateeka bwʼeri eyʼoyo akola ebintu byonna okusinziira ku magezi agʼokwagala kwe; ffe Abayudaaya tulyoke tumuleetere okugulumizibwa, ffe abaasooka okuba nʼessuubi mu Kristo. Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo ekyʼEnjiri eyʼokulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa, gwe musingo gwʼobusika bwaffe, okutuusa bwʼalinunula abantu be, ne Katonda nʼagulumizibwa era nʼatenderezebwa.

Edda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe. Ebyo bye mwatambulirangamu ngʼemirembe egyʼensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogwʼomukulu wʼobuyinza obwʼomu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna. Edda naffe twatambuliranga mu kwegomba kwʼemibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri nʼebirowoozo. Era okufaanana ngʼabantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ngʼabalala bonna. Kyokka olwʼokwagala kwe okungi, nʼekisa kye ekingi, ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa. Katonda yatuzuukiriza wamu ne Kristo okuva mu kufa ne tufuna obulamu, era atutuuzizza mu bifo ebyʼomu ggulu, okumpi ne Kristo Yesu. Ekyo Katonda yakikola alyoke alage, mu mirembe egigenda okujja, ekisa kye ekingi kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu. Mwalokolebwa lwa kisa olwʼokukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda. Tekwatuweebwa lwa bikolwa byaffe; noolwekyo omuntu yenna aleme okwenyumirizanga. Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.

kale mwambulemu obulamu obwʼomuntu owʼedda, avunda olwʼokwegomba okwʼobulimba. Mufuuke baggya olwʼOmwoyo afuga ebirowoozo byammwe, era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okwʼamazima.

Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa.

Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.

Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, nʼobugwagwa bwonna, nʼomululu bireme okuwulirwa mu mmwe. Mwewale okwogera ebyʼensonyi, nʼebyʼobusirusiru, nʼokubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda. Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. Omuntu yenna tabalimbalimbanga nʼebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera.

Yaginaaza nʼamazzi, nʼagitukuza nʼekigambo kye, alyoke yeefunire Ekkanisa eyʼekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde.

Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu.

Neesiga era nsubirira ddala nti Sijja kuswala mu nsonga nʼemu, wabula ne kaakano nzija kuguma nga bulijjo, Kristo agulumizibwe mu mubiri gwange, oba okuyita mu bulamu oba okuyita mu kufa. Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde.

Kubanga mwaweebwa omukisa, ku lwa Kristo, si mu kumukkiriza kyokka, naye nʼokubonaabona ku lulwe.

Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo nʼokusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti Mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana.

Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ngʼOmwoyo bwʼatuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.

Ekyo newaakubadde nkibabuulidde emirundi emingi, nkiddamu nga nkaaba nʼamaziga, nti Waliwo abalabe bʼomusaalaba gwa Kristo, era ekibalindiridde kwe kuzikirira, kubanga okulya kubafuukidde katonda waabwe, ebyo ebyandibakwasizza ensonyi kye kitiibwa kyabwe era balowooza bintu bya mu nsi. Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. Kale bwʼalijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ngʼogugwe ogwʼekitiibwa, ngʼakozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.

Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

Katonda eyatuwonya nʼatuggya mu maanyi gʼekizikiza aga Setaani, nʼatutwala mu bwakabaka bwʼOmwana we omwagalwa, atusonyiwa ebibi byaffe, nʼatufuula ba ddembe.

Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe nʼebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ngʼabakyawa Katonda. Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olwʼokufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa.

Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kwʼomubiri, naye si okukomolebwa okwʼengalo zʼabantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo. Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olwʼokukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu. Mwali mufudde olwʼebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obwʼokwegomba kwʼomubiri. Katonda nʼabafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna.

Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, kubanga mwafa era nʼobulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. Kristo atuwa obulamu, bwʼalirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe ebyʼomubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, nʼobutali bulongoofu, nʼobukaba, nʼokwegomba okwʼensonyi, nʼokuyaayaana; kye kimu nʼokusinza bakatonda abalala. Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana abʼobujeemu abakola ebintu ebyo, ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, nʼekiruyi, nʼettima, nʼokuvvoola, nʼokunyumya emboozi eyʼensonyi. Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu owʼedda nʼebikolwa bye,

Ngʼabalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, nʼekisa, nʼobuwombeefu, nʼobuteefu, nʼobugumiikiriza. Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

kubanga ayonoona, alisasulwa olwʼebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bwʼalikomawo nʼabatukuvu be bonna.

Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu nʼekitiibwa,

Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ngʼayita mu Mukama waffe Yesu Kristo,

naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. Mwewalenga buli ngeri ya kibi. Katonda owʼemirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, nʼemmeeme yammwe nʼomubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olwʼokujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.

Naye kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, abooluganda abaagalwa mu Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye, ngʼabatukuza olwʼokukola kwʼOmwoyo nʼokukkiriza amazima,

Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, nʼabatatya Katonda, nʼabatali batukuvu, nʼabagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era nʼabatta abantu abalala, nʼabenzi, nʼabalya ebisiyaga, abagula nʼabatunda abaddu, abalimba nʼabalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu,

Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala. Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo.

ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima.

Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya wʼabantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu.

Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti Mu nnaku ezʼoluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, nʼenjigiriza ya baddayimooni, nga bawubisibwa obukuusa bwʼabantu abalimba, abʼemitima egiri ngʼegyasiriizibwa ekyuma ekyengeredde.

Ebyo bibalagire, baleme kubaako kya kunenyezebwa.

okuumenga ekiragiro nga tekiriiko bbala, wadde ekyʼokunenyezebwa okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo,

Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olwʼEnjiri ngʼoyambibwa amaanyi ga Katonda, eyatulokola nʼatuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ngʼasinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ngʼebikolwa byaffe bwe biri, naye olwʼekigendererwa kye ye, nʼekisa kye, kye yatukwatirwa ngʼayita mu Kristo Yesu okuva edda nʼedda Lyonna. Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kwʼOmulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, nʼaleeta obulamu obutazikirizibwa ngʼayita mu Njiri,

Kyenva ngumira ebintu byonna olwʼabalonde nabo balyoke balokolebwe era bafune, nʼekitiibwa ekitaggwaawo ekiri mu Kristo Yesu. Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti: “Obanga twafiira wamu naye, era tulibeera balamu wamu naye. Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Obanga tumwegaana era naye alitwegaana.

Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era gulina akabonero kano: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama ave mu butali butuukirivu.”

Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, nʼokuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza, era aluŋŋamya nʼobwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima, ne bava mu mutego gwa Setaani gwe baguddemu abakozese byʼayagala, ne badda engulu mu kutegeera kwabwe.

Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, nga ba nkwe, nga baagala ebyʼamasanyu okusinga bwe baagala Katonda; nga balina ekifaananyi ekyʼokutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu abʼengeri eyo obeewalanga.

Era bonna abaagala okuba mu bulamu obutya Katonda mu Kristo Yesu, banaayigganyizibwanga.

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, omuntu wa Katonda alyoke abe ngʼatuukiridde, ngʼalina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

Kye nsigazza kwe kufuna engule eyʼobutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gyʼalimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa nʼabo bonna abeegomba okujja kwe.

Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe nʼemirembe. Amiina.

ebyesigamye ku kusuubira okwʼobulamu obutaggwaawo, Katonda owʼamazima kwe yasuubiza ngʼebiro ebyʼemirembe nʼemirembe tebinnabaawo,

Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise, era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, nʼokwegomba kwʼensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano; nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, nʼokulabika kwʼekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo; eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga eryʼenvuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.

nʼatulokola, si lwa bikolwa ebyʼomu butuukirivu bye twakola, wabula olwʼokusaasira kwe mu kunaazibwa okwʼokuzaalibwa okwʼomulundi ogwokubiri nʼokufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu,

Bwe tulimala okutukuzibwa olwʼekisa kye, tulyoke tufune omugabo mu kusuubira obulamu obutaggwaawo.

Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si ku lwa nga tuwaba ne tubivaako. Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era nʼajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira, ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira.

Yabonaabona, ye yennyini ngʼakemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.

Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogwʼobutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu.

Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ngʼekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo nʼomu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bwʼekibi.

Kyogerwako nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye temukakanyaza mitima gyammwe nga bali bwe baajeema.”

Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu. Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula. Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka nʼatakola kibi kyonna. Kale tusembererenga entebe ya Katonda eyʼobwakabaka eyʼekisa nʼobuvumu, tufune okusaasirwa nʼekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.

Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi ebyʼomu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, ne bamanya obulungi bwʼekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi agʼemirembe egigenda okujja, naye ne bava ku Katonda. Baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu.

Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolereza.

“Eno yʼendagaano gye ndiragaana nʼennyumba ya Isirayiri, oluvannyuma lwʼennaku ezo, bwʼayogera Mukama. Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe, nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.

Era ndibasaasira, nʼebibi byabwe siribijjukira nate.”

Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogwʼente ennume, naye yayingira mu Watukuvu wʼAwatukuvu omulundi gumu gwokka nʼomusaayi gwe; bwʼatyo ye yennyini nʼatufunira obulokozi obutaggwaawo.

Noolwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, okufa bwe kwabaawo olwʼokununulibwa okuva mu byonoono ebyʼomu ndagaano eyasooka, abo abaayitibwa abʼobusika obutaggwaawo balyoke baweebwe ekisuubizo.

Era mu mateeka buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.

Ngʼabantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu nʼoluvannyuma okulamulwa ne kutuuka, era ne Kristo bwʼatyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi byʼabantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.

Twatukuzibwa olwʼokwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.

naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka eyʼemirembe gyonna, olwʼebibi, nʼalyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

Kubanga olwʼekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obwʼemirembe gyonna. Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bwʼayogera nti, “Eno yʼendagaano gye ndikola nabo, oluvannyuma lwʼennaku ezo, bwʼayogera Mukama. Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe, era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.” Ayongerako kino nti, “Sirijjukira nate bibi byabwe newaakubadde obujeemu bwabwe.” Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olwʼebibi.

Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu wʼAwatukuvu olwʼomusaayi gwa Yesu, eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe, kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga yʼafuga ennyumba ya Katonda, tusembere awali Katonda nʼomwoyo ogwʼamazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga nʼemibiri gyaffe ginaazibbwa nʼamazzi amatukuvu.

Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olwʼekibi. Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogwʼekibonerezo ekyʼomuliro ogwʼamaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda. Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza. Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era nʼomusaayi gwʼendagaano ogunaazaako ebibi nʼaguyisa ngʼogwa bulijjo, era nʼanyoomoola Omwoyo owʼekisa, talibonerezebwa nʼobukambwe obusingawo? Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama yʼaliramula abantu be.” Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!

Okukkiriza kwe kukakasa ebyo bye tusuubira, bwe butabaamu kakunkuna newaakubadde nga tebirabika.

Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era nʼabo abamunoonya nʼobwesigwa abawa empeera.

Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene ekyʼabajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu nʼekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga nʼokugumiikiriza embiro ezʼempaka ezatutegekerwa,

Temunnalwanagana na kibi okutuusa ne kukuyiwa omusaayi!

Mufubenga okuba nʼemirembe nʼabantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama.

Oluvannyuma ne bwe yagezaako okusikira omukisa ogwo, teyasiimibwa, era teyafuna mukisa kwenenya newaakubadde nga yagunoonya nʼamaziga mangi.

Obufumbo mubussangamu ekitiibwa nʼebirayiro byabwo, kubanga abakaba nʼabenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.

Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka eyʼokutendereza Katonda, kye kirabo ekyʼemimwa, nga twatula erinnya lye.

Kale, Katonda owʼemirembe eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba wʼendiga omukulu owʼendagaano etaggwaawo gye yanyweza nʼomusaayi gwe,

Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bwʼalimala okusiimibwa aliweebwa engule eyʼobulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala. Omuntu yenna bwʼakemebwanga, tagambanga nti, “Katonda ye yankemye,” kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu nʼomu.

Naye buli muntu akemebwa ngʼokwegomba kwe okubi, bwe kuli, nʼasendebwasendebwa. Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, nʼekibi bwe kikula ne kizaala okufa.

Kale mulekenga emize gyonna, nʼekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize nʼobuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe. Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba.

Era omuntu akwata amateeka gonna, naye nʼasobyako erimu, omusango gumusinga mu ngeri yʼemu ngʼoli asobezza amateeka gonna.

Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti Mulina okukkiriza kyokka ngʼokukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ngʼokukkiriza ngʼokwo kugenda kubalokola? Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, naye omu ku mmwe nʼamugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? Noolwekyo nʼokukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.

Kaakano mutegedde ngʼomuntu asiimibwa Katonda olwʼebyo byʼakola, so si lwa kukkiriza kyokka.

Ngʼomubiri bwe guba omufu omwoyo bwe gutagubeeramu, nʼokukkiriza bwe kutyo kuba kufu bwe kuteeyolekera mu bikolwa.

Mmwe abenzi temumanyi ngʼokuba mikwano gyʼensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bwʼalondawo okuba mukwano gwʼensi afuuka mulabe wa Katonda. Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira nʼokwagala okujjudde obuggya”? Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti, “Katonda alwana nʼabʼamalala naye abawombeefu abawa ekisa.” Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi bʼebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, nʼessanyu lifuuke okunakuwala. Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.

Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo nʼokukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba nʼomutima omumalirivu ogwʼomuntu omutuukirivu, kubeera nʼobuyinza bungi, era nʼebivaamu biba bya ttendo.

Abooluganda, singa omu ku mmwe akyama nʼava ku mazima, ne wabaawo amukomyawo, omuntu oyo akomyawo munne eri Katonda, aba awonyezza omwoyo gwa munne okufa era ngʼamuleetedde nʼokusonyiyibwa ebibi byonna.

Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olwʼokusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olwʼokuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu. Bwʼatyo nʼatusuubiza omugabo mu busika, ogwʼolubeerera ogutakyusa langi era ogutafuma, gwʼatuterekedde mu ggulu. Era Katonda, mu buyinza bwe, alibakuuma olwʼokukkiriza kwammwe, nʼabatuusa mu bulokozi obwateekebwateekebwa okubikkulirwa mu biro ebyʼenkomerero.

Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera. Kubanga okugezesebwa kwʼokukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro nʼekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo nʼekitiibwa nʼokugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lwʼalirabikirako. Newaakubadde nga Yesu oyo temumulabangako, kyokka mumwagala, era ne kaakano temumulaba naye mumukkiriza ne mujjula essanyu eritayogerekeka ne mumugulumiza, era ekiva mu kukkiriza kwammwe kwe kulokolebwa kwʼemyoyo gyammwe.

Mugonderenga Katonda, kubanga muli baana be, muleme kufugibwa okwegomba kwammwe okubi okwʼedda, kwe mwatambulirangamu mu butamanya. Kale, nga Katonda eyabayita bwʼali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”

Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ngʼabagenyi ku nsi kuno. Kubanga mumanyi nti Mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu. Wabula mwanunulibwa nʼomusaayi gwa Kristo ogwʼomuwendo omungi ennyo, ogwʼomwana gwʼendiga ogutaliiko kamogo oba ebbala.

Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olwʼokukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana nʼomutima ogutaliimu bukuusa. Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era ekyʼolubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. Kubanga, “Abantu bonna bali ngʼomuddo, nʼekitiibwa kyabwe kiri ngʼekimuli kyʼomuddo. Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa. Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.” Era ekigambo ekyo yʼEnjiri eyababuulirwa.

Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olwʼebiwundu bye, mwawonyezebwa. Kubanga mwali muwabye ngʼendiga, naye kaakano mukomezebbwaawo eri Omusumba era alabirira obulamu bwammwe.

Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olwʼebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lwʼabatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka nʼabeera mulamu mu mwoyo.

Amazzi ago gaali kabonero akʼokubatizibwa mulyoke mulokolebwe kaakano. Kubanga okubatizibwa tekitegeeza kunaazibwako kko lya mubiri, wabula kitegeeza kwewaayo eri Katonda nga tumaliridde okukola byʼayagala, ngʼatuwadde omutima omulongoofu olwʼokuzuukira kwa Yesu Kristo, eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼafuga bamalayika nʼaboobuyinza, nʼabaamaanyi abʼomu ggulu.

Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mumalirire okubonaabona nga ye. Kubanga abonaabona mu mubiri aba takyafugibwa kibi. Okuva kaakano nga muli mu nsi muno, mugoberere ebyo Katonda byʼayagala, so si kugoberera kwegomba kwammwe okwʼomubiri. Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obwʼomwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala.

Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda. Nʼekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi.

Abaagalwa, temwewuunya obulumi obwʼamaanyi bwe bubatuukako ngʼabatuukiddwako ekintu ekitali kya bulijjo. Kyokka musanyuke kubanga mugabanye ku kubonaabona kwa Kristo, mulyoke mujjule essanyu, ngʼekitiibwa kye kirabise.

Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ngʼatandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda? “Era obanga kizibu omutuukirivu okulokolebwa, kale aboonoonyi nʼabatatya Katonda balikolebwa batya?”

Noolwekyo abo ababonaabona olwʼokutuukiriza ekyo Katonda kyʼayagala, basaanidde okuwaayo obulamu bwabwe eri Katonda waabwe omwesigwa, bakole obulungi.

Mumwaŋŋange ngʼabalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti Ebibonoobono ebiri ngʼebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna. Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ngʼayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza.

Kale, abooluganda mweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwammwe ne mu kuyitibwa kwammwe. Kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temulyesittala nʼomulundi nʼogumu. Era mulyanirizibwa nʼessanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.

Mukama amanyi okuwonya nʼokuggya mu kugezesebwa abamutya, nʼabonereza abatali bakkiriza okutuusa ku lunaku olwʼokusalirako omusango,

Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ngʼabamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.

Kale, abaagalwa, nga bwe mulindirira ebintu ebyo okubaawo mufubenga nnyo okuba abalongoofu abataliiko kya kunenyezebwa nga mulina emirembe.

Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima. Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bwʼali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, nʼomusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna. Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era nʼamazima tegaba mu ffe. Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa nʼokutunaazaako obutali butuukirivu bwonna. Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga nʼekigambo kye tekiri mu ffe.

Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bwʼakolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu. Ye, ye mutango olwʼebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lwʼebibi byʼabantu bonna. Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera. Kyokka oyo agamba nti amutegeera nʼatakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima. Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ngʼokwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye. Oyo agamba nti Ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.

Baana bange abaagalwa, mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olwʼerinnya lye.

Temwagalanga nsi, wadde ebyʼensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe. Kubanga buli ekyʼensi: okwegomba kwʼomubiri, nʼokwegomba kwʼamaaso, nʼokwekuluntaza okwʼobulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi. Ensi nʼokwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda byʼayagala abeerera emirembe gyonna.

Kyenva mbawandiikira, si lwa kubanga temumanyi mazima, naye lwa kubanga mugategeera era mumanyi okwawula ebyʼobulimba nʼebyʼamazima. Omulimba yʼani, wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo. Omuntu oyo yennyini ye Mulabe wa Kristo, era oyo takkiririza Kitaffe wadde Omwana. Kubanga buli atakkiriza Mwana era ne Kitaffe tamukkiriza. Buli ayatula Omwana aba alina ne Kitaffe.

Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza: obulamu obutaggwaawo. Mbawandiikidde bino olwʼokubanga waliwo abo ababalimbalimba.

Kaakano, abaana abaagalwa, munywerere mu Kristo, bwʼalirabika tulyoke tube bagumu abatalikwatibwa nsonyi ku lunaku lwʼaliddirako. Nga bwe mumanyi nti Mukama mutuukirivu, kirungi mutegeere nti oyo akola ebyʼobutuukirivu ye mwana we.

Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bwʼali omutukuvu.

Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu. Naye mmwe mumanyi nti ye, yalabisibwa alyoke aggyewo ebibi. Era mu ye, temuliimu kibi. Era tewali nʼomu abeera mu ye ate ne yeeyongera okukola ekibi. Wabula oyo eyeeyongera okukola ekibi tamutegeeranga, era tamumanyi nʼakatono. Abaana abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga muntu nʼomu; Buli akola ebyʼobutuukirivu aba mutuukirivu, nga Katonda bwʼali omutuukirivu, naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani. Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda. Ku kino abaana ba Katonda nʼaba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda.

Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa.

Era kino kyʼatulagira nti, tukkiririze mu linnya lyʼOmwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga ye bwe yatulagira. Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ngʼali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.

Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda. Naye buli atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala.

Kale buli ayatula nti Yesu Mwana wa Katonda, nga Katonda ali mu ye era nga naye ali mu Katonda.

Omuntu yenna bwʼagamba nti, “Njagala Katonda,” naye nʼakyawa muganda we, omuntu oyo mulimba. Kubanga buli atayagala muganda we gwʼalabako, tasobola kwagala Katonda gwʼatalabangako. Era Katonda yennyini yatulagira nti, “Buli ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.”

Buli akkiriza nti Yesu ye Kristo, oyo aba mwana wa Katonda, era buli ayagala kitaawe wʼomwana ayagala nʼomwana we. Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola byʼatulagira. Kubanga okwagala kwa Katonda kwe kukola ebyo byʼatulagira okukola. Okukola byʼatulagira si kizibu, kubanga buli mwana wa Katonda awangula ekibi nʼokwegomba ensi, era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe. Naye ani ayinza okuwangula ensi okuggyako oyo akkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda?

Kale buli akkiririza mu Mwana wa Katonda akyetegeezeza ddala ye yennyini. Oyo atakkiririza mu Katonda ngʼamufudde mulimba, kubanga takkiriza ekyo Katonda kyʼayogera ku Mwana we. Era buno bwe bujulirwa nti: “Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu buno buli mu Mwana we.” Buli alina Omwana alina obulamu, naye oyo atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.

Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya lyʼOmwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti Mulina obulamu obutaggwaawo.

Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gyʼali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bwʼasiima atuwulira.

Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani nʼatamukola kabi.

Buli asukka ku ebyo Kristo byʼayigiriza nʼatabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe nʼOmwana. Omuntu yenna bwʼajja gye muli, nʼatayigiriza bwʼatyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, nʼokulamusa temumulamusanga. Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.

nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olwʼobulamu obutaggwaawo. Mubeerenga ba kisa eri abo ababuusabuusa mu kukkiriza, nʼabalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi zʼomuliro, nʼabalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ngʼaboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe. Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu kkubo lye, era nʼokubatuusa mu maaso ge agʼekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu;

era nʼokuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era yʼafuga bakabaka abʼomu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe nʼomusaayi gwe,

Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda. Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bwʼotookole bwʼotyo ndijja gyʼoli ne nzigyawo ekikondo kyʼettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya.

Noolwekyo weenenye, bwʼotookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo nʼekitala ekyʼomu kamwa kange.

Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe.

Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo kyʼobulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti Oyo muntu wange.

Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ngʼoyokya oba ngʼonnyogoga. Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange.

Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso nʼotomanya ngʼoli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe wʼamaaso era ali obwereere. Nkuwa amagezi onguleko ebya zaabu, eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale. Era onguleko ebyambalo ebyeru, obyambale, owone ensonyi ezʼokuyita obwereere; onguleko nʼomuzigo osiige ku maaso go, osobole okulaba. Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya.

Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange nʼaggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi.

Buli awangula ndimukkiriza okutuula ngʼanninaanye, ku ntebe yange eyʼobwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye.

Ne nziramu nti. “Mukama wange, gwʼomanyi.” Nʼaŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gwʼOmwana gwʼEndiga.

Ne bamuwangula olwʼomusaayi gwʼOmwana gwʼEndiga, nʼolwʼekigambo ekyʼobujulirwa bwabwe, ne bawaayo obulamu bwabwe nga tebatya na kufa.

Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa.

Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa.”

Ani ataakutye Ayi Mukama, nʼatagulumiza linnya lyo? Ggwe wekka gwe Mutukuvu, amawanga gonna galijja ne gasinziza mu maaso go, Kubanga ebikolwa byo ebyʼobutuukirivu birabise.”

Awo ne ndaba entebe eyʼobwakabaka enjeru nʼOyo eyali agituddeko. Ensi nʼebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. Ne ndaba abafu abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, nʼekitabo ekirala kyʼekitabo ekyʼobulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ngʼebikolwa bye bwe byali.

Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.” Oyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka nʼagamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era nʼaŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!” Nʼaŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ezʼamazzi amalamu, agʼobuwa. Buli awangula alifuna ebyo byonna ngʼomugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange. Naye abo ababi nʼabatakkiriza nʼabagwagwa, nʼabassi, nʼabenzi, nʼabalogo nʼabasinza ebifaananyi, nʼabalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja eyʼomuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era nʼomugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, nʼabatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.

“Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa olukusa okuyingira mu miryango gyʼekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogwʼobulamu.

Omwoyo nʼOmugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi agʼobulamu agʼobuwa.

Ntegeeza buli omu awulira ebigambo ebyʼobunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo byʼobunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogwʼobulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net