11 – Ekibi

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Ekibi.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olwʼekibi. Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogwʼekibonerezo ekyʼomuliro ogwʼamaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda.

tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda; ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.

Kyenvudde mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti Nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 359 ebitundu

Mukama Katonda nʼalagira omuntu nti, “Emiti gyonna egyʼomu nnimiro olyangako, naye omuti ogwʼokumanya ekirungi nʼekibi ogwo togulyangako, kubanga lwʼoligulyako tolirema kufa.”

Awo omukazi bwe yalaba ngʼomuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, nʼanoga ekibala kyagwo nʼalya; nʼawaako ne bba naye nʼalya.

Awo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka, ne bategeera nga baali bwereere; ne baluka amalagala gʼemiti ne beekolera ebyokwambala. Awo ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ngʼatambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja nʼomukazi ne beekweka mu miti Mukama Katonda aleme okubalaba. Naye Mukama Katonda nʼayita omusajja nti, “Oli ludda wa?” Nʼaddamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.” Nʼamubuuza nti, “Ani akubuulidde nti Oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?”

Omusajja nʼaddamu nti, “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange yʼampadde ekibala ne ndya.” Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino kyʼokoze?” Omukazi nʼaddamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.”

Awo Mukama Katonda nʼagamba nti, “Laba omuntu afuuse ngʼomu ku ffe okumanyanga ekirungi nʼekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe nʼanoga ku muti ogwʼobulamu nʼalya, nʼawangaala emirembe gyonna.” Bwʼatyo Mukama Katonda nʼagoba omuntu mu nnimiro Adeni agende alimenga ettaka mwe yaggyibwa. Bwe yamala okugobamu omuntu, nʼateekamu Bakerubi nʼekitala ekimyansa ekyʼobwogi ku buli ludda okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogwʼobulamu.

Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini nʼasunguwala nnyo, ne ndabika yʼamaaso ge nʼewaanyisibwa. Mukama nʼabuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era nʼendabika yʼamaaso go lwaki ewaanyisiddwa? Bwʼonookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bwʼotokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.” Kayini nʼagamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini nʼagolokokera ku muganda we Aberi, nʼamutta.

Katonda nʼalaba ngʼekibi kyʼomuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza yʼomutima gwʼomuntu mbi njereere ebbanga lyonna.

Awo Mukama nʼagamba nti, “Olwʼokunkaabirira okusukkiridde olwʼebibi bya Sodomu ne Ggomola ebingi ennyo,

“Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.” “Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana nʼekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi wʼensi. Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olwʼebibi bya bakitaabwe nʼebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna ogwʼabo abankyawa. Naye abo enkumi nʼenkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo. ”

“Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ngʼolayira ebitaliimu nsa; kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.

“Tottanga.” “Toyendanga.” “Tobbanga.” “Towaayirizanga muntu munno.” “Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omulenzi, newaakubadde omuweereza we omuwala, wadde ente ye oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”

Musa nʼagamba abantu nti, “Temutya, kubanga Katonda azze kubagezesa, mumutyenga bulijjo, mulyoke muleme okwonoona.”

“Akubanga kitaawe oba nnyina, ateekwa buteekwa okuttibwa.” “Oyo awambanga omuntu nʼamutunda oba nʼakwatibwa naye nga tannamutunda attibwanga buttibwa.” “Anaakolimiranga kitaawe oba nnyina ateekwa kuttibwa.”

“Omuntu akola ebyʼensonyi nʼensolo ateekwanga kuttibwa.

“Tosaasaanyanga ŋŋambo. Teweegattanga na muntu mubi, ngʼowa obujulirwa obwʼobulimba bulyoke bumuyambe.

“Omuntu bwʼanazzanga omusango mu kyonna kyonna ku ebyo ebizze byogerwako, anaateekwanga okwatula ekibi ekyo kyʼanaabanga akoze,

“ ‘Teweebakanga na mukyala wa munnansi yammwe okumukolako ebyensonyi, nʼakuleetera obutali bulongoofu.

“ ‘Mu baana bo towangayo nʼomu ngʼekiweebwayo ekyokeddwa mu muliro eri Moleki, kubanga erinnya lya Katonda wo tosaanira kuliweebuulanga. Nze Mukama.

“ ‘Teweebakanga na musajja nga bwe wandyebase nʼomukazi, ekyo kibi ekikyayibwa ennyo.

“ ‘Tokolanga byansonyi ku nsolo kubanga ekyo kinaakufuulanga atali mulongoofu. Omukazi teyeewangayo eri ensolo emukoleko ebyensonyi, okwo kwe kuwabira ddala.

“ ‘Abantu bonna abanaakolanga ebintu ebyo ebibi ebikyayibwa ennyo, abantu ngʼabo banaagobwanga ne bagaanibwa okukolagana ne bannaabwe.

“Tobbanga, era tokumpanyanga, era temulimbagananga.

Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna owʼomu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala. Nze Mukama.

“Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bwʼebintu. Mubanga ne minzaani entuufu, nʼamayinja agapima obuzito amatuufu, nʼekipima ebikalu (efa) ekituufu, nʼekipima ebiyiikayiika ngʼamazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi yʼe Misiri.

“ ‘Noolwekyo mwetukuze mubeerenga batukuvu, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.

Tegeeza abaana ba Isirayiri nti Omuntu yenna anaakolimiranga Katonda we anaabanga nʼobuvunaanyizibwa olwʼekibi ekyo. Oyo yenna anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga. Ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja. Ne bwʼanaabanga omugwira oba Omuyisirayiri, bwʼanavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga.

Omuntu bwʼanaaleetanga akamogo ku munne nʼamulumya, ekyo kyʼakoze ku munne naye kye kinaamukolwangako: obuvune olwʼobuvune, eriiso olwʼeriiso, erinnyo olwʼerinnyo; nga bwʼanaabanga alumizza munne, naye bwʼatyo bwʼanaalumizibwanga.

“Naye bwe baneenenyanga ebibi byabwe nʼebyonoono bya bakitaabwe nʼobunnanfuusi bwabwe gye ndi nʼobujeemu bwabwe,

“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Omuntu yenna omusajja oba omukazi bwʼanaasobyanga eri munne mu ngeri yonna, bwʼatyo anaabanga asobezza eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaabangako omusango,

Abantu ne bajja awali Musa, ne bamugamba nti, “Twayonoona bwe twakwemulugunyiza ne twemulugunyiza ne Mukama Katonda, ne tuboogerako bubi. Tusaba weegayirire Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa nʼasabira abantu.

“Naye bwe mutalikola bwe mutyo, muliba musobezza nnyo awali Mukama Katonda, era mutegeerere ddala ngʼekibi kyammwe ekyo kiribayigga ne kibakwasa.

“Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.” “Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana nʼekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi wʼensi. Ebyo tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga Nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olwʼebibi bya bakitaabwe nʼebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna ogwʼabo abankyawa. Naye abo enkumi nʼenkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.”

“Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ngʼolayira ebitaliimu nsa: kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.”

“Tottanga.” “Toyendanga.” “Tobbanga.” “Towaayirizanga muntu munno.” “Teweegombanga mukyala wa muntu munno. So teweegombanga nnyumba ya muntu munno, newaakubadde ennimiro ye, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”

“Noolwekyo mwegenderezenga nnyo, mukolenga nga Mukama Katonda wammwe bwʼabalagidde; mulemenga okukyama okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono.

Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga mu muliro. Teweegombanga zaabu na ffeeza anaabibeerangako. So tomwetwaliranga alemenga kukufuukira mutego; kubanga ekikolwa ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo. Toyingizanga mu nnyumba yo kintu kyonna ekyomuzizo, olemenga kuba mukolimire ngʼekintu ekyo bwe kiri. Onookikyayiranga ddala era onookitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa.

Tossanga mu nsawo zo mayinja gapima ga ngeri bbiri ezʼenjawulo, ngʼerimu lizitowa, kyokka nga linnaalyo liwewuka. Tobeeranga na bipima bya ngeri bbiri ebyʼenjawulo, ngʼekimu kinene, kyokka nga kinnaakyo kitono. Kikugwanira obeerenga nʼamayinja agapima obuzito obutuufu, era nʼebipima ebirala ebya mazima era ebituufu, olyoke owangaalenga ngʼoli mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa. Kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala abo bonna abakola ebyo ebitali bya bwesigwa.

“Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ngʼekyo kyonna Mukama kyʼakyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo nʼabaako ne wakiyimiriza mu kyama.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

“Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

“Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

“Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

“Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

Awo olunaatuukanga bwʼotoogonderenga ddoboozi lya Mukama Katonda wo, nʼotokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye nkulagira leero, kale ebikolimo bino byonna binaakutuukangako ne bibeera naawe:

Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala. Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda, eri bakatonda be batamanyangako, bakatonda abaggya abaali baakatuuka bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.

Naye abaana ba Isirayiri ne bagamba Mukama Katonda nti, “Twayonoona. Tukole kyonna kyʼonoolaba nga kye kitusaanira. Kyokka tulokole kaakano.

Mu biro ebyo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri, era buli muntu yakolanga nga bwʼalaba.

Ekibi kyʼabavubuka abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga baanyoomanga ekiweebwayo kya Mukama Katonda.

Kubanga obujeemu buli ngʼekibi ekyʼokusamira, era nʼobukakanyavu buli ngʼekibi ekyʼokusinza bakatonda abalala. Kubanga ojeemedde ekigambo kya Mukama, naye akugaanye okuba kabaka.”

“Bwe banaayonoonanga mu maaso go, kubanga tewali muntu atasobyanga, nʼobasunguwalira nʼobagabula eri omulabe, ne batwalibwa mu nsi eyeewala oba eyokumpi;

Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi nʼaboobuwala ngʼebiweebwayo mu muliro, ne bakola ebyʼobufumu nʼebyʼobulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga Mukama, okumusunguwaza. Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, nʼabagoba mu maaso ge, nʼalekawo ekika kya Yuda kyokka.

kale, owulirenga okusaba kwabwe nʼokwegayirira kwabwe, ngʼosinziira mu ggulu, ekifo gyʼobeera obaddiremu, era osonyiwe abantu bo abakwonoonye.”

Nʼawaayo abaana be ngʼekiweebwayo, nʼabookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, nʼakola ebyʼobufumu, nʼalagulira mu bire, nʼakola ebyʼobulogo, nʼagendanga nʼeri abaliko emizimu ne ddayimooni. Nʼakola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, nʼasunguwaza nnyo Mukama.

Bwʼetyo enkomerero bwʼebeera eyʼabo bonna abeerabira Katonda, essuubi lyʼabatatya Katonda bwe libula.

Singa nyonoona, ondaba era tewandindese nʼotombonereza.

Naye mmwe mumpayiriza; muli basawo abatagasa mmwe mwenna!

Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze? Ndaga ekibi kyange era nʼomusango gwange.

Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu, oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu?

Awo omuntu nʼakomawo eri abantu nʼabagamba nti, Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi, naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde. Yanunula emmeeme yange nʼamponya okukka mu bunnya; kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.

Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kwʼababi, era atayimirira mu kibiina kyʼababi, newaakubadde okutuula nʼabo abanyooma ebya Katonda.

Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo. Bali ngʼebisusunku ebifuumuuliddwa. Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango; newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina kyʼabatuukirivu. Kubanga Mukama alabirira ekkubo lyʼabatuukirivu, naye ekkubo lyʼabakola ebibi liribula.

Mmwe abaana bʼabantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange? Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, nʼokunoonya ebyʼobulimba?

Abʼamalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go: kubanga okyawa abakola ebibi bonna. Abalimba bonna obazikiriza; Mukama akyawa abatemu era nʼabalimba.

Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu; muleke agwe mu nkwe ezo zʼasaze. Kubanga omubi yeewaana ngʼanyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe, agabula aboomululu nʼavuma Mukama. Omubi mu malala ge tanoonya Katonda.

Mu kamwa ke mujjudde okukolima nʼobulimba awamu nʼokutiisatiisa; ebigambo bye bya mutawaana era bibi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Aboogera bwe batyo boonoonefu, bakola ebitasaana tekuli nʼomu ku bo akola kirungi.

Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange; onzigyeko ebibi byange byonna.

Zabbuli ya Dawudi. Masukiri Alina omukisa oyo asonyiyiddwa ebyonoono bye ekibi ne kiggyibwawo.

Awo ne nkwatulira ekibi kyange, ne sibikkirira kwonoona kwange. Ne njogera nti, “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.” Bwʼotyo nʼonsonyiwa, nʼonziggyako omusango gwʼebibi byange.

Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba; takyalina magezi era takyakola birungi.

Tonyiiganga era weewale ekiruyi; teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.

Ddala ddala njatula ebyonoono byange; nnumirizibwa ekibi kyange.

Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ngʼamaze okutwala Basuseba nʼokutemula bba, Uliya. Onsaasire, Ayi Mukama, ggwe alina okwagala okutaggwaawo. Olwʼokusaasira kwo okungi nziggyaako ebyonoono byange byonna. Nnaazaako obutali butuukirivu bwange, ontukulize ddala okuva mu kibi kyange. Ebyonoono byange mbikkiriza, era ebibi byange mbimanyi bulijjo. Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye, ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ngʼolaba; noolwekyo byʼoyogera bituufu, era nʼensala yo eyʼomusango ya bwenkanya.

Ddala, nazaalibwa mu kibi; kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.

Totunuulira bibi byange, era osangule ebyonoono byange byonna. Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda, era onteekemu omwoyo omulungi munda yange. Tongoba wʼoli, era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.

Oteekateeka enkwe ezʼokuzikiriza. Olulimi lwo lwogi nga girita era buli kiseera lwogera bya bulimba.

Ya Mukulu wa Bayimbi; Zabbuli ya Dawudi Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Boonoonefu, nʼempisa zaabwe mbi nnyo; tewali nʼomu akola kirungi. Katonda atunuulira abaana bʼabantu ngʼasinziira mu ggulu, alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera era abamunoonya. Bonna bamukubye amabega ne boonooneka; tewali akola kirungi, tewali nʼomu.

Amalala gaabwe nʼebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe, nʼebigambo byʼoku mimwa gyabwe leka byonna bibatege ngʼomutego. Kubanga bakolima era ne boogera ebyʼobulimba.

Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange, nʼokusobya kwange tekukukwekeddwa.

tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda; ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.

Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona, ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.

Totubalira kibi kya bajjajjaffe; tukusaba oyanguwe okutusaasira kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo. Tuyambe olwʼekitiibwa kyʼerinnya lyo, Ayi Katonda owʼobulokozi bwaffe; otuwonye era otutangiririre olwʼebibi byaffe olwʼerinnya lyo.

Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go, nʼebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo wʼoli.

Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi, akuuma obulamu bwʼabamwesiga, nʼabawonya okuva mu mukono gwʼomukozi wʼebibi.

Atayogera mazima taabeerenga mu nnyumba yange. Omuntu alimba sirimuganya kwongera kubeera nange.

Tatukola ngʼokwonoona kwaffe bwe kuli, wadde okutusasula ngʼebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri. Ngʼeggulu bwe litumbidde ennyo waggulu wʼensi, nʼokwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya. Ebibi byaffe abituggyako nʼabitwala wala ngʼebuvanjuba bwʼeri ewala okuva ebugwanjuba.

Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola; tukoze ebibi ne tusobya nnyo.

naye beetabika nʼabannaggwanga ago ne bayiga empisa zaabwe. Baasinza ebifaananyi ebikole nʼemikono ebyʼamawanga ago ne bibafuukira omutego. Baawaayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bakatonda abo. Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe abataliiko musango, be baawangayo eri ebifaananyi ebikole nʼemikono Abakanani bye baakola, ensi nʼeyonoonebwa nʼomusaayi gwabwe. Beeyonoona olwʼebyo bye baakola, ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.

Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu; abatambulira mu mateeka ga Mukama.

Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.

Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo; weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.

Amaziga gakulukuta mu maaso gange ngʼomugga, olwʼabo abatakwata mateeka go.

Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange. Ngezesa omanye ebirowoozo byange. Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu; era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.

Mwana wange abakozi bʼebibi bwe bakusendasendanga, tokkirizanga.

Omuntu ataliiko kyʼagasa, omusajja omubi agenda ayogera ebigambo ebitabulatabula, agenda atemyatemya ku liiso, nga bwʼakuba ebigere ate nga bwʼasongasonga olunwe, olwʼomutima omukyamu, ateekateeka okukola ebibi, bulijjo aleeta obutakkaanya mu bantu!

Waliwo ebintu mukaaga Mukama byʼakyawa, weewaawo musanvu ebyʼomuzizo gyʼali. Amaaso agʼamalala, emimwa egirimba, okuttira abantu obwereere; Omutima ogutegeka okukola ebibi, ebigere ebyanguwa okukola ebibi, obujulizi obwʼobulimba, nʼomuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.

Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi; nkyawa amalala nʼokwemanya, nʼobuteeyisa bulungi nʼenjogera eyʼobubambaavu.

Mukama akyawa abantu abalina emitima emikyamu, naye abʼamakubo amagolokofu be bamusanyusa. Mutegeerere ddala ngʼabakozi bʼebibi tebalirema kubonerezebwa, naye bazzukulu bʼabatuukirivu tebalibaako musango.

Waliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu, naye ngʼenkomerero yaalyo kufa.

Enkwe za muzizo eri Mukama, naye ebigambo ebisaanidde, bimusanyusa. Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana, naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.

Buli muntu alina omutima ogwʼamalala wa muzizo eri Mukama; weewaawo talirema kubonerezebwa.

Omuntu omubambaavu asiikuula entalo, nʼowʼolugambo ayawukanya abʼomukwano enfirabulago.

Omuntu bwʼasasula ekibi olwʼobulungi, ekibi tekiriva mu nnyumba ye.

Eyejjeereza omukozi wʼebibi nʼoyo avumirira omutuukirivu, bombi ba muzizo eri Mukama.

Omujulizi owʼobulimba talirema kubonerezebwa, era oyo ayogera ebyʼobulimba taliba na buddukiro.

Entegeka ezʼobusirusiru muvaamu kwonoona, abantu beetamwa omukudaazi.

Olulimi olulimba lukyawa abo be lufumita, nʼakamwa akawaanawaana kaleeta okuzikirira.

Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama, nʼokusaba kwe tekukkirizibwa.

Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana, naye buli abyatula nʼabireka, alisaasirwa. Alina omukisa omuntu atya Mukama ebbanga lyonna, naye oyo akakanyaza omutima gwe abonaabona.

Omufuzi bwʼawuliriza ebyʼobulimba, abakungu be bonna bafuuka babi.

abo abeeraba ngʼabatuukirivu bo mu maaso gaabwe, ate nga tebanaazibwangako bibi byabwe.

Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka, kubanga obusungu bubeera munda yʼabasirusiru.

Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu, atakola bibi.

Kale byonna biwuliddwa; eno yʼenkomerero yaabyo: Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge, kubanga ekyo omuntu kyʼagwanira okukola. Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa; ekyo ekyakwekebwa, nga kirungi oba nga kibi.

muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi, mulekeraawo okukola ebibi.

“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,” bwʼayogera Mukama; “ebibi byammwe ne bwe biba ngʼolugoye olumyufu binaafuuka byeru ngʼomuzira, ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu, binaatukula ngʼebyoya byʼendiga.

Naye abeewaggula nʼabakozi bʼebibi balizikirizibwa wamu, nʼabo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.

Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango, era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu awatali kukweka nʼakatono. Zibasanze! Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.

Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi nʼekirungi ekibi, abafuula ekizikiza okuba ekitangaala, nʼekitangaala okuba ekizikiza, abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera nʼekiwoomerera okuba ekikaawa. Zibasanze abo abeeraba ngʼabalina amagezi, era abagezigezi bo nga bwe balaba.

Kale ngʼolulimi lwʼomuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu, era ngʼomuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro, bwe gityo nʼemirandira gyabwe bwe girivunda, era nʼebimuli byabwe bifuumuuke ngʼenfuufu; kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda owʼEggye, era ne banyooma ekigambo kyʼOmutukuvu wa Isirayiri.

Ndibonereza ensi olwʼokwonoona kwʼayo, nʼabakozi bʼebibi olwʼebyonoono byabwe. Era ndimalawo okweyisa kwʼabʼamalala era nzikakkanya okwenyumiriza kwʼabo abakambwe.

Weewaawo bano bantu bajeemu, baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.

Omusirusiru ayogera bya busirusiru, nʼomutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu. Akola ebyʼobutatya Katonda, era ayogera bya bulimba ku Mukama, nʼabayala abaleka tebalina kintu, nʼabalumwa ennyonta abamma amazzi. Empisa zʼomwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu nʼebigambo ebyʼobulimba, ensonga yʼabali mu kwetaaga ne bwʼeba nga ntuufu.

“Nze, Nze mwene, nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze, so sirijjukira bibi byo. Nzijukiza ebyʼedda, tuwoze ffembi, jjangu ensonga tuzoogereko fembi, yogera ebiraga nga toliiko musango.

Naye yafumitibwa olwʼokusobya kwaffe. Yabetentebwa olwʼobutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera nʼemirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya. Ffenna twawaba ngʼendiga; buli omu ku ffe nʼakwata ekkubo lye; Mukama nʼamuteekako obutali butuukirivu bwaffe ffenna.

Embwa ezirina omululu omuyitirivu ezitakkuta. Basumba abatayinza kutegeera, bonna abakyamye mu makubo gaabwe; buli muntu ngʼafa ku kwenoonyeza kyʼanaalya.

Muzannyira ku ani? Ani gwe mukongoola ne mumusoomooza? Temuli baana ba bujeemu, ezzadde eryobulimba?

Naye obutali butuukirivu bwammwe bwe bubaawudde ku Katonda wammwe. Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge, nʼatawulira. Kubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi nʼengalo zammwe zibunye obutali butuukirivu, emimwa gyammwe gyogedde ebyʼobulimba, nʼennimi zammwe zʼogedde ebyʼekko. Tewali awaaba bya nsonga so tewali awoza mu mazima; Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera ebyʼobulimba, ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.

Ffenna twafuuka batali balongoofu era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde ekko. Ffenna tuwotookerera ne tukala ngʼekikoola, era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.

Kubanga ne bwʼonaaba nʼoluvu nʼokozesa ne sabbuuni omungi, naye era ebbala lyo nʼobutali butuukirivu bwo bisigala bikyalabika,” bwʼayogera Mukama Katonda.

Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe, mwajeemera Mukama Katonda wammwe, mwasinza bakatonda abalala, wansi wa buli muti oguyimiridde, era ne mutaŋŋondera,’ ” bwʼayogera Mukama.

Leka tugalamire, ngʼensonyi zitutta, nʼobuswavu bwaffe butuyitiridde kubanga twonoonye eri Mukama Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe, okuva mu buto bwaffe nʼokutuusa ku lunaku luno; kubanga tetugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”

Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe. Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?

Bakwatibwa ensonyi olwʼebikolwa byabwe ebyʼemizizo? Nedda. Tebakwatibwa nsonyi nʼakatono. Noolwekyo baligwira wamu nʼabo abaligwa; balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,” bwʼayogera Mukama.

Wuliriza, ggwe ensi: laba, ndeeta akabi ku bantu bano, byʼebibala byʼenkwe zaabwe, kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange nʼetteeka lyange baligaanye.

Kale laba, mwesiga ebigambo ebitaliimu, ebitagasa. “Munabba ne mutta, ne mukola obwenzi ne mulayira ebyʼobulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga; ne mulyoka mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno, eyitibwa Erinnya lyange, ne mugamba nti, ‘Tuli bulungi, tuli bulungi,’ ne mulyoka mukola ebyʼemizizo byonna?

Kale lwaki abantu bange bano banvaako ne bagendera ddala?

Nawuliriza nʼobwegendereza naye tebayogera mazima; tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze nʼokwebuuza nti, ‘Kiki kino kyenkoze?’ Buli muntu akwata kkubo lye ngʼembalaasi efubutuka ngʼetwalibwa mu lutalo.

“Bategeka olulimi lwabwe ngʼomutego ogunasula obulimba; bakulaakulanye mu ggwanga naye nga tebayimiridde ku mazima, kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala; era tebammanyi,” bwʼayogera Mukama. “Mwegendereze mikwano gyammwe era temwesiganga baganda bammwe: kubanga buli wa luganda mulimba na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza. Buli muntu alimba muliraanwa we era tewali nʼomu ayogera mazima. Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.

Olulimi lwabwe kasaale akatta, lwogera bya bulimba, buli muntu ayogeza mirembe nʼakamwa ke, naye mu mutima gwe ategeka kumutega.

Mukama nʼagamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange. Naye, bagoberedde obukakanyavu bwʼemitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.”

“Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama, baako kyʼokola olwʼerinnya lyo. Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi, tukwonoonye nnyo.

Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe era nʼobutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, kubanga ddala twayonoona gyʼoli.

Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etawonyezeka. Ani ayinza okugutegeera?

Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi ndabye ekintu ekibi ennyo. Bakola ebyʼobwenzi ne batambulira mu bulimba. Bagumya abo abakozi bʼebibi ne wataba nʼomu ava mu kwonoona kwe. Bonna bali nga Sodomu gye ndi; abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”

Emirundi mingi natuma abaddu bange bannabbi, abaabagamba nti, ‘Temukola bintu bino ebyʼomuzizo bye nkyawa!’

Mukama nga takyayinza kugumiikiriza bikolwa byammwe bibi nʼebyʼemizizo bye mwakola, ensi yammwe kyeyava efuuka ekikolimo nʼekyenyinyalwa era eteriimu bantu, nga bweri leero.

Naye ennyumba ya Isirayiri si beetegefu kukuwuliriza kubanga si beetegefu kumpuliriza; era ennyumba ya Isirayiri yonna balina ekyenyi kikalubo nʼemitima mikakanyavu.

Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Olwʼobugagga bwo bwe walaga, nʼoyanika obwereere bwo wakati mu baganzi bo ngʼokola ebikolwa ebyʼobwenzi, nʼolwa bakatonda bo abalala abʼekivve, nʼokuwaayo omusaayi gwʼabaana bo,

“Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza: ye ne bawala be baali baamalala, nga baamululu abatafaayo, wadde okuyamba abaavu abaali mu bwetaavu.

Buli kiramu, kyange; obulamu bwʼomuzadde nʼobwʼomwana bwonna nabwo bwange.

Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olwʼebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olwʼebibi ebyʼomwana we. Obutuukirivu bwʼomuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, nʼobutali butuukirivu bwʼoyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.’

“Naye omuntu atali mutuukirivu bwʼalikyuka nʼalekeraawo okukola ebibi byonna, nʼakuuma ebiragiro byange byonna nʼakola ebyʼensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa. Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olwʼebyʼobutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu. Mulowooza nga nsanyukira okufa kwʼatali mutuukirivu? Bwʼayogera Mukama. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ngʼakyuse okuva mu ngeri ze nʼaba omulamu?”

“Naye omuntu omutuukirivu bwʼalekeraawo okukola ebyʼobutuukirivu, nʼakola ebyʼekivve bye bimu nʼebyʼomuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo ebyʼobutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olwʼobutaba mwesigwa aliba nʼomusango, era nʼolwʼebibi bye yakola, alifa.”

Omuntu omutuukirivu bwʼaleka okukola ebikolwa bye ebyʼobutuukirivu nʼakola ebibi, mwʼalifiira, kubanga ebibi byʼakoze bye birimuleetera okufa.

Naye bwʼalikyuka okuva mu butali butuukirivu bwe bwʼakoze, nʼakola ebyʼensonga era ebituufu, alirokola obulamu bwe. Era bwʼalirowooza ku bibi byonna byʼakoze, nʼakyuka nʼalekeraawo okubikola, mazima ddala aliba mulamu, talifa.

“Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ngʼebikolwa byammwe bwe biri, bwʼayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira. Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya nʼomwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri? Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bwʼayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu.”

Era eyo gye mulijjuukirira enneeyisa yammwe nʼebikolwa byammwe byonna bye mweyonoonyesa, era mulyetukuza olwʼebibi byonna bye mwakola.

Omuntu omutuukirivu bwʼalikyuka okuva mu butuukirivu bwe nʼakola ebibi, alifa olwʼebibi bye. Ate omukozi wʼebibi bwʼalikyuka okuleka obutali butuukirivu bwe nʼakola ebyalagirwa era ebituufu, aliba mulamu olwʼebyo byʼakoze.

Mwesiga ekitala, ne mukola ebyʼekivve, buli musajja nʼayenda ku muka muliraanwa we. Kale munaayinza mutya okugabana ensi?

Waliwo okukolima, nʼokulimba, nʼokutta, nʼokubba, nʼokukola ebyʼobwenzi; bawaguza, era bayiwa omusaayi obutakoma.

Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Olwʼebyonoono bya Yuda ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama, ne batakuuma biragiro bye nabawa ne bagondera bakatonda abʼobulimba bajjajjaabwe be baagobereranga.

Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse, alina ensawo ezʼebipimo ebyʼobulimba? Abagagga baakyo bakambwe nʼabatuuze baamu balimba nʼennimi zaabwe tezoogera mazima.

“Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira ebyʼobulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya Mukama,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.

Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga yʼalirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”

Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira byʼabuulira. Nʼababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.

“Mwawulira abʼedda bwe baagambibwa nti, ‘Tottanga, na buli anattanga, anaawozesebwa.’ Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lwʼabakulembeze bʼAbayudaaya nʼawozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena.

“Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Toyendanga!’ Naye mbagamba nti Buli muntu atunuulira omukazi nʼamwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe. Noolwekyo obanga eriiso Lyo erya ddyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule wala. Kubanga kirungi okugenda mu ggulu ngʼebitundu byo ebimu tobirina okusinga okugenda nabyo byonna mu ggeyeena. Era obanga omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ebibi, kirungi okugutemako ogusuule wala. Okugenda mu ggulu ngʼekitundu kyʼomubiri gwo ekimu tokirina kisinga okugenda mu ggeyeena nʼebitundu byʼomubiri gwo byonna.

Kyagambibwa nti, ‘Buli anaagobanga mukazi we, anaawanga omukazi oyo ebbaluwa eyʼokumugoba.’ Naye mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we wabula olwʼobwenzi anaabanga amwenzesezza, nʼoyo anaawasanga omukazi gwe bagobye anaabanga ayenze.”

Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bwʼali Omutuukirivu.”

Totuganya kukemebwa naye tulokole eri omubi.

“Kubanga bwe munaasonyiwanga ababasobezza, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga. Naye bwe mutaasonyiwenga bannammwe, nammwe Kitammwe ali mu ggulu taabasonyiwenga.”

Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi. Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, nʼomuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi. Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro. Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”

“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obwʼomu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala. Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga ebyʼobunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola nʼebyamagero bingi mu linnya lyo.’ Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”

Noolwekyo mbategeereza ddala nti Omuntu alisonyiyibwa buli kibi kyonna, na buli kuvvoola. Naye alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa. Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana wʼOmuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja.

Era mbategeeza nti Buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olwʼokusalirako emisango. Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango.”

Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, nʼobwenzi, nʼobukaba, nʼobubbi, nʼokuwaayiriza, nʼokuvvoola.

Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye nʼafiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olwʼobulamu bwe?

Naye alyesitazza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”

Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ngʼogongobadde oba ngʼolemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ngʼolina emikono ebiri nʼebigere bibiri. Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ngʼolina eriiso limu okusinga okugenda mu muliro gwa ggeyeena ngʼolina amaaso go gombi.”

“Muganda wo bwʼakusobyanga ogendanga gyʼali nʼomutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bwʼakkirizanga nʼakwetondera olwo ngʼoggyeemu omuntu mu muganda wo. Naye bwʼagaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bwʼabantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. Naye bwʼagaananga okubawuliriza ngʼensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza wʼomusolo.

Awo Peetero nʼajja nʼabuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bwʼansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?” Yesu nʼamuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.”

“Kale ne Kitange ali mu ggulu bwʼatyo bwʼalibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”

Era mbagamba nti Omuntu yenna anaagobanga mukazi we okuggyako olwʼobwenzi, nʼamala awasa omulala, anaabanga ayenze, nʼoyo anaawasanga oyo agobeddwa anaabanga ayenze.”

Awo omuntu omu nʼamusemberera nʼamubuuza nti, “Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?” Yesu nʼamuddamu nti, “Lwaki ombuuza ebikwata ku birungi? Omulungi ali omu, naye bwʼobanga oyagala okuyingira mu bulamu, ggondera amateeka.” Nʼamuddamu nti, “Ge galuwa?” Yesu nʼamugamba nti, “ ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’”

“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kwʼekikopo ne kungulu kwʼebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu nʼokwefaako mwekka.

Olwʼobujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola.

kubanga guno gwe musaayi gwange ogwʼendagaano oguyiika ku lwʼabantu abangi, olwʼokusonyiyibwa ebibi.

Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”

Yokaana yajja ngʼabatiriza mu ddungu, ngʼabuulira okubatiza okwʼokwenenya olwʼokusonyiyibwa ebibi. Ensi yonna eyʼe Buyudaaya nʼabantu bonna abʼomu Yerusaalemi, ne bagendanga gyʼali, nʼababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe.

ngʼagamba nti, “Ekiseera kituukiridde, nʼobwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.”

Era nʼayongerako na bino nti, “Ebirowoozo byʼomuntu bye bimwonoona. Kubanga mu mutima gwʼomuntu mwe muva ebirowoozo ebibi ebyʼobukaba, nʼobubbi, nʼobutemu, nʼobwenzi, nʼokwegomba, nʼomutima omubi, nʼobukuusa, nʼobumenyi bwʼamateeka, nʼobuggya, nʼokusekeeterera, nʼobusirusiru. Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona.”

Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Okuba nʼomukono ogumu nʼoyingira mu bulamu kisinga okuba nʼemikono ebiri nʼolaga mu ggeyeena, envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira.

Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema nʼoyingira mu bulamu kisinga okuba nʼebigere ebibiri nʼolaga mu ggeyeena envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira.

Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ngʼoli wa liiso limu okusinga okubeera nʼamaaso go gombi, nʼosuulibwa mu ggeyeena, envunyu gye zitafa nʼomuliro gye gutazikira.

Awo Yesu bwe yali ngʼatambula, omusajja nʼajja gyʼali ngʼadduka, nʼamufukaamirira nʼamubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, nsaanidde kukola ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” Yesu nʼamuddamu nti, “Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi nʼomu wabula Katonda yekka. Amateeka gano ogamanyi. ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”

Bwe mubanga mugenda okusaba musonyiwenga omuntu yenna gwe mulinako ensonga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ebyonoono byammwe.

Naye bwe mutaasonyiwenga, ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa byonoono byammwe.”

Mutunule musabe, muleme kukemebwa. Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”

Okumanyisa abantu be obulokozi, obwʼokusonyiyibwa ebibi byabwe.

Yokaana nʼatambulanga ngʼagenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ngʼategeeza abantu obubaka obwʼokubatizibwa obwʼokwenenya olwʼokusonyiyibwa ebibi,

Yesu nʼabaanukula nti, “Abalwadde be beetaaga omusawo, so si abo abatali balwadde. Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi okwenenya.”

Noolwekyo nkutegeeza nti Omukazi ono asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi, naye oyo asonyiyibwa ebitono nʼokwagala kwe kuba kutono.” Awo Yesu nʼagamba omukazi nti, “Osonyiyiddwa ebibi byo.” Abo abaali ne Yesu ku mmeza ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani asonyiwa nʼebibi?”

Ezaagwa ku lwazi be bawulira ne basanyukira ekigambo, kyokka ne kitaba na mizzi. Be bakkiriza, naye okugezesebwa bwe kujja ne bagwa.

Era otusonyiwe ebyonoono byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatukolako ebisobyo. So totutwala mu kukemebwa.’ ”

Mu ngeri yʼemu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olwʼomwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”

Mbategeeza nti Mu ngeri yʼemu omukozi wʼebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”

“Omugagga nʼaddamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ngʼava mu bafu, bajja kwenenya.’ “Awo Ibulayimu nʼamugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’ ”

Mwekuume. “Muganda wo bwʼayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga. Ne bwʼakusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi nʼajja gyʼoli nʼakwenenyeza, musonyiwenga.”

“Naye omuwooza nʼayimirira wala nʼatasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ngʼasaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ngʼasaba nti ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’

Awo omu ku bakulembeze bʼAbayudaaya nʼabuuza Yesu nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” Yesu nʼamuddamu nti, “Lwaki ompita omulungi? Tewali mulungi wabula Katonda yekka. Amateeka ogamanyi nti, ‘Toyendanga, tottanga, tobbanga, tolimbanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”

Era mu linnya lye Enjiri eyʼokwenenya nʼokusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi.

Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza nʼalaba Yesu ngʼajja, nʼagamba nti, “Mulabe Omwana gwʼEndiga owa Katonda aggyawo ebibi byʼensi.

Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo nʼOmwana wʼOmuntu kimugwanira okuwanikibwa, buli amukkiriza alyoke afune obulamu obutaggwaawo. “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya lyʼOmwana oyo omu yekka owa Katonda. Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa. Naye buli ajja eri omusana akola ebyʼamazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”

Oluvannyuma lwʼebyo Yesu nʼamulaba mu Yeekaalu, nʼamugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.”

Ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, omukazi ono akwatibbwa ngʼayenda. Amateeka Musa ge yatulagira gagamba kubakuba mayinja abali ngʼono. Noolwekyo ggwe ogamba otya ku nsonga eyo?” Ekyo baakyogera nga bamugezesa, bafune kye banaasinziirako okumuwawaabira. Naye Yesu nʼakutama nʼawandiika ku ttaka nʼolunwe. Bwe beeyongera okumubuuza, nʼakutaamulukuka, nʼagamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako yʼaba asooka okumukuba ejjinja.” Nʼaddamu okukutama, era nʼawandiika ku ttaka nʼolunwe. Bwe baawulira ebyo, ne baseebulukuka kinnoomu, abasinga obukulu nga be basoose, okutuusa Yesu nʼomukazi bwe baasigalawo bokka mu maaso gʼekibiina. Awo Yesu nʼakutaamulukuka ate, nʼabuuza omukazi nti, “Abakuwawaabira baluwa?” Omukazi nʼamuddamu nti, “Mukama wange, tewali nʼomu.” Yesu nʼamugamba nti, “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”

Kyenvudde mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti Nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”

Yesu nʼabaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Buli akola ekibi aba muddu wa kibi.

Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola byʼayagala.

Kyokka buli agaana Nze era nʼagaana nʼebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olwʼenkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza.

“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange,

Ye bwʼalijja, alirumiriza ensi olwʼekibi, nʼolwʼobutuukirivu nʼolwʼomusango, kubanga tebanzikkiriza, olwʼobutuukirivu kubanga ŋŋenda eri Kitange era temukyandaba, nʼolwʼomusango, kubanga omufuzi wʼensi eno asaliddwa omusango.

Peetero nʼabagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu.

Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe,

“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli.

Noolwekyo weenenye ekikolwa ekyo ekibi weegayirire Mukama, oboolyawo Katonda ayinza okukusonyiwa ebirowoozo byo ebyo ebibi.

Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bwʼoyatudde erinnya lye.’

Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna nʼabakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo.

Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira ebyʼobugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka. Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo kyʼokusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe nʼemirembe. Amiina. Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okwʼobuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe eyʼobuzaaliranwa nʼabasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa. Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri eyʼobuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. Nʼekyava mu bikolwa ebyo ebyʼobugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe.

Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera nʼomutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana. Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, nʼebibi, nʼomululu, nʼobukyayi, nʼobuggya, nʼobussi, nʼentalo, nʼobulimba, nʼenkwe, nʼokwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo, era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala nʼokwekulumbaza, nga bagunjawo enkola yʼebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe. Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira. Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti Abantu abakola ebintu ngʼebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima nʼabo ababikola.

Gwe anenya omuntu omulala, okola ebibi bye bimu ne byʼonenyeza omuntu oyo. Kyonoova olema okubeera nʼekyʼokuwoza, kubanga bwʼokola bwʼotyo, weesalira wekka omusango.

Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu. Walibaawo ennaku nʼokubonaabona ku buli mmeeme yʼomuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya nʼoluvannyuma ku Munnaggwanga.

Kino kiribaawo ku lunaku Katonda kwʼaliramulira abantu olwʼebyo bye baakisa, ngʼenjiri yange bwʼeri ku bwa Yesu Kristo.

Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti Ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, nʼakatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga. Ngʼebyawandiikibwa bwe bigamba nti: “Tewali mutuukirivu nʼomu. Tewali ategeera wadde anoonya Katonda. Bonna baakyama, bonna awamu baafuuka kitagasa; tewali nʼomu akola obulungi, tewali nʼomu.”

“Nʼokutya tebatya Katonda.” Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lwʼabo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ngʼensi yonna bwe yasobya.

Kubanga tewali nʼomu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olwʼebikolwa byʼamateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.

Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda. Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olwʼekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo; Katonda yaweereza Kristo okuba omutango, bwe tukkiriza Kristo olwʼomusaayi gwe yayiwa. Alaga obutuukirivu bwe mu kugumiikiriza ebibi ebyakolebwa edda, be bantu abaayonoona mu biseera biri ebyʼedda.

“Baweereddwa omukisa, abasonyiyiddwa ebyonoono byabwe, ne baggyibwako ebibi byabwe.

Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo nʼatufiirira. Kale obanga twaweebwa obutuukirivu olwʼomusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda.

Ekibi kyajja mu nsi olwʼomuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri yʼemu olwʼokuba nga bonna baayonoona, bonna balifa. Ekibi kyaliwo mu nsi ngʼamateeka tegannabaawo. Kyokka Katonda teyagamba nti be balina okuvunaanyizibwa olwʼebibi byabwe, kubanga Amateeka gaali tegannabeerawo.

Amateeka gaatekebwawo, amaanyi gʼekibi galyoke galabisibwe. Kyokka ekibi bwe kyeyongera, ekisa kya Katonda kyo ne kyeyongera nnyo okusingawo. Ngʼekibi bwe kyafugira mu kufa, nʼekisa kya Katonda kifugira mu butuukirivu ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola? Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye?

Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olwʼekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya. Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi ekyʼokufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. Tumanyi kino nti omuntu waffe owʼedda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gwʼekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. Omuntu bwʼafa aba takyafugibwa kibi.

Omuntu bwʼafa aba takyafugibwa kibi. Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda. Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.

Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo. Temuwangayo bitundu byammwe ebyʼomubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ngʼabantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe ebyʼomubiri gwammwe bikozesebwe ebyʼobutuukirivu eri Katonda. Temukkiriza kibi kwongera kubafuga, kubanga temukyafugibwa mateeka, wabula ekisa kya Katonda.

Kale tukole tutya? Kale tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa kya Katonda? Kikafuuwe. Temumanyi nga muba baddu bʼoyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu bʼekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda nʼabawa obutuukirivu.

Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa nʼomutima gwammwe gwonna, ne mukugondera. Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda. Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe ebyʼomubiri okuba abaddu bʼebirowoozo ebyʼobugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe ebyʼomubiri okuba abaddu bʼobutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu.

Bwe mwali abaddu bʼekibi, temwafugibwanga butuukirivu. Kale mwagasibwa ki mu kukola ebintu ebyo, ebibaleetera ensonyi? Enkomerero yaabyo kufa.

Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, nʼenkomerero bwe bulamu obutaggwaawo. Empeera yʼekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Kubanga bwe twali tukyafugibwa omubiri, okwegomba kwʼebibi kwakoleranga mu bitundu byaffe ebyʼomubiri olwʼamateeka, era enkomerero kwali kufa. Naye kaakano tetukyafugibwa mateeka. Tuli bafu eri ebyo ebyali bitusibye, era tebitulinaako buyinza. Noolwekyo tuyinza okuweereza Katonda mu ngeri empya eya Mwoyo Mutukuvu, so si mu nkola enkadde eyʼamateeka.

Kale tunaayogera ki? Amateeka kye kibi? Kikafuuwe. Singa tewaali mateeka, sanditegedde kibi. Nʼokwegomba kwʼomubiri sandikutegeeredde ddala singa amateeka tegaagamba nti, “Teweegombanga.” Ekibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu. Edda nali mulamu awatali mateeka, naye etteeka bwe lyajja, ekibi ne kiramuka, nʼokufa ne nfa. Era nʼenkizuula ngʼetteeka eryali liteekwa okumpa obulamu, lye lyandetera okufa. Ekibi kyeyambisa ekiragiro ekyo ne kinnimba, era ne kinzita.

Ekibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu.

Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala.

Tumanyi ngʼamateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ngʼomuddu nfugibwe ekibi. Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola. Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ngʼamateeka malungi. Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze. Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi nʼakamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola. Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola. Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.

Noolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi. Mu nze mu muntu owʼomunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda. Naye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka agʼenjawulo nga gawakana nʼetteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe wʼamateeka agʼekibi, ekikolera mu mubiri gwange. Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa? Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe. Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu wʼamateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ngʼokwegomba kwange okwʼomubiri, mpeereza etteeka lyʼekibi.

Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okwʼomubiri wabula ne bagoberera Omwoyo. Kubanga etteeka eryʼOmwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka lyʼekibi nʼokufa. Amateeka ga Musa kye gataayinza kukola, olwʼokunafuyizibwa omubiri, Katonda yakikola mu Mwana we yennyini bwe yamutuma mu kifaananyi kyʼomubiri ogwʼekibi, nʼasalira ekibi omusango mu mubiri. Ekyo kyabaawo, ebyʼobutuukirivu mu mateeka biryoke bituukirire mu ffe bwe tugondera Omwoyo, ffe abatatambulira mu mubiri naye abatambulira mu Mwoyo. Abo abalowooleza mu mubiri balowooza bintu bya mubiri, naye abalowooleza mu Mwoyo balowooza bya Mwoyo. Okulowooleza mu byʼomubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu nʼemirembe. Kubanga okulowooza ebyʼomubiri kya bulabe eri Katonda. Ebirowoozo ebyʼomubiri tebiyinza kuwulira mateeka ga Katonda. Nʼabo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda.

Noolwekyo abooluganda tulina ebbanja, so si eri omubiri okugondera bye gutulagira. Kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa. Naye bwe munnatta ebikolwa ebyʼomubiri, muliba balamu,

Era eyo ye ndagaano yange nabo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”

Mube nʼokwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi,

Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” nʼetteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”

Tutambulenga ngʼabʼomu musana, so si mu binyumu ne mu kutamiira, ne mu bwenzi nʼobukaba, ne mu kuyombagana nʼobuggya, naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ngʼokwegomba kwagwo bwe kuli.

Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso gʼentebe ya Katonda, eyʼokulamula.

Naye oyo abuusabuusa bwʼalya, omusango gumaze okumusinga, kubanga talya lwa kukkiriza, era na buli ekitava mu kukkiriza kiba kibi.

Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, nʼebyʼesittaza ebikontana nʼokuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega. Kubanga abantu ngʼabo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi ebyʼokuwaanawaana nga balimbalimba emitima gyʼabanafu.

Temumanyi nti Mmwe muli Yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.

Mbawandiikira nga mbalabula obutegattanga na benzi, so si okwewala abenzi abʼensi eno, oba aboomululu, oba abakumpanya, oba abasinza bakatonda abalala, kubanga kyandibagwanidde mmwe okuva mu nsi. Naye kaakano mbawandiikira nga mbategeeza nti Mwewale omuntu yenna ayitibwa owooluganda ngʼate mwenzi, owoomululu, asinza bakatonda abalala, oba omuvumi, oba omutamiivu oba omukumpanya. Abʼengeri eyo nʼokulya temulyanga nabo. Kale nze nfaayo ki okusalira abʼebweru omusango? Lwaki sisalira abo abali mu mmwe? Naye abʼebweru Katonda ye abasalira. Omubi oyo ali mu mmwe mumuggyeemu.

Oba temumanyi ngʼabatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ngʼabakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga, newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo nʼOmwoyo wa Katonda waffe.

Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu kyʼakola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini. Oba temumanyi ngʼomubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era nʼemibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.

Tetusaana kubeera benzi ngʼabamu ku bo bwe baali, abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu ku bo ne bafa mu lunaku lumu. Era tetusaana kukema Kristo ngʼabamu ku bo bwe baakola, emisota ne gibazikiriza. Era temwemulugunyanga ngʼabamu ku bo bwe baakola, ne battibwa omuzikiriza. Ebyo byonna byabatuukako ngʼekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olwʼokutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero. Kale alowooza ngʼayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa.

Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, nʼabalaga nʼekkubo eryʼokubiwangula.

Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olwʼebibi byaffe, ngʼEbyawandiikibwa bwe bigamba, era nti Yaziikibwa, nʼazuukizibwa ku lunaku olwokusatu ngʼEbyawandiikibwa bwe bigamba,

Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” Mweddemu, mutambulirenga mu butuukirivu mulekeraawo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi.

Obuyinza obulumya buva mu kibi, nʼamaanyi gʼekibi gava mu mateeka.

Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso gʼentebe ya Kristo eyʼokusalirako omusango, buli muntu asalirwe olwʼebyo bye yakola ngʼakyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi.

Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.

Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ngʼebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri nʼomwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.

Kubanga kye ntya oboolyawo kwe kubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; oboolyawo nga waliwo okuyomba, nʼobuggya, nʼobusungu, nʼokwawukana, nʼokugeyaŋŋana, nʼolugambo, nʼokwekuluntaza, nʼokutabukatabuka; bwe ndijja nate, Katonda wange aleme kuntoowaza mu maaso gammwe, ne nkaabira abo bonna abaayonoona edda, ne bateenenya obutali bulongoofu, nʼobwenzi, nʼobugwagwa bye baakola.

Naye ebyawandiikibwa bitegeeza nti Ebintu byonna bifugibwa kibi, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abakkiriza olwʼokukkiriza mu Yesu Kristo.

Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. Kubanga okwegomba kwʼomubiri kulwanagana nʼOmwoyo, nʼOmwoyo nʼalwanagana nʼomubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala. Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka.

Ebikolwa byʼomubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, nʼebirala ebiri ngʼebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti Buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

Nʼabo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri nʼokwegomba kwagwo, nʼomululu gwagwo. Kale bwe tuba abalamu ku bwʼOmwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kwʼOmwoyo.

Abooluganda omuntu bwʼabanga alina ekibi kyʼakoze, mmwe abʼomwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.

Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu kyʼasiga era kyʼalikungula. Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.

Mu oyo mwe tununulibwa olwʼomusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ngʼobugagga bwʼekisa kye bwe buli,

Edda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe. Ebyo bye mwatambulirangamu ngʼemirembe egyʼensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogwʼomukulu wʼobuyinza obwʼomu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna. Edda naffe twatambuliranga mu kwegomba kwʼemibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri nʼebirowoozo. Era okufaanana ngʼabantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ngʼabalala bonna.

Ngʼomugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ngʼabatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe ebyʼobusirusiru. Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu byʼobulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu. Tebakyalina nsonyi, beemalidde mu bya buwemu, na mululu gwa kukola bya bugwenyufu ebya buli ngeri.

kale mwambulemu obulamu obwʼomuntu owʼedda, avunda olwʼokwegomba okwʼobulimba. Mufuuke baggya olwʼOmwoyo afuga ebirowoozo byammwe, era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okwʼamazima.

Okunyiiga, nʼobusungu, nʼobukambwe, nʼokukaayana, nʼokuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe.

Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, nʼobugwagwa bwonna, nʼomululu bireme okuwulirwa mu mmwe. Mwewale okwogera ebyʼensonyi, nʼebyʼobusirusiru, nʼokubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda. Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. Omuntu yenna tabalimbalimbanga nʼebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera.

Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola. Kubanga kya nsonyi nʼokubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama.

Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe.

Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe nʼebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ngʼabakyawa Katonda. Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olwʼokufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa.

Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe ebyʼomubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, nʼobutali bulongoofu, nʼobukaba, nʼokwegomba okwʼensonyi, nʼokuyaayaana; kye kimu nʼokusinza bakatonda abalala. Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana abʼobujeemu abakola ebintu ebyo, ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, nʼekiruyi, nʼettima, nʼokuvvoola, nʼokunyumya emboozi eyʼensonyi. Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu owʼedda nʼebikolwa bye,

kubanga ayonoona, alisasulwa olwʼebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu nʼekitiibwa,

Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa. Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu.

naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. Mwewalenga buli ngeri ya kibi. Katonda owʼemirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, nʼemmeeme yammwe nʼomubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olwʼokujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.

mu muliro ogwaka, nʼabonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu.

Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, nʼabatatya Katonda, nʼabatali batukuvu, nʼabagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era nʼabatta abantu abalala, nʼabenzi, nʼabalya ebisiyaga, abagula nʼabatunda abaddu, abalimba nʼabalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu,

Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala. Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo.

Kyokka abo aboonoona banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye.

Ebibi byʼabantu abamu birabika lwatu nga tebannasalirwa musango kubasinga, naye ebyʼabalala birabika luvannyuma.

Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego akʼokwegomba okwʼobusirusiru era okwʼakabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira. Kubanga okululunkanira ensimbi yʼensibuko yʼebibi byonna, era olwʼokululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.

Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, nga ba nkwe, nga baagala ebyʼamasanyu okusinga bwe baagala Katonda; nga balina ekifaananyi ekyʼokutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu abʼengeri eyo obeewalanga. Mu abo mulimu abasensera mu mayumba ne bawamba abakazi abanafu mu mwoyo abazitoowereddwa ebibi, era abawalulwa okwegomba okubi okwa buli ngeri, abayiga bulijjo, kyokka ne batatuuka ku kutegeerera ddala amazima,

Naye abakozi bʼebibi nʼabalimba abeefuula okuba ekyo kye batali balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babula.

Bagamba nti Bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu, tebasaanira kuweebwa mulimu mulungi nʼakatono.

Kubanga naffe ffennyini twali basirusiru era abajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, nʼamasanyu aga buli ngeri, nga tuli ba ttima era abʼobuggya, nga tukyayibwa era nga tukyawagana.

Yabonaabona, ye yennyini ngʼakemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.

Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ngʼekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo nʼomu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bwʼekibi.

Kyogerwako nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye temukakanyaza mitima gyammwe nga bali bwe baajeema.”

Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka nʼatakola kibi kyonna.

Kubanga olwʼekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obwʼemirembe gyonna. Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bwʼayogera nti, “Eno yʼendagaano gye ndikola nabo, oluvannyuma lwʼennaku ezo, bwʼayogera Mukama. Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe, era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.” Ayongerako kino nti, “Sirijjukira nate bibi byabwe newaakubadde obujeemu bwabwe.” Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olwʼebibi.

Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olwʼekibi. Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogwʼekibonerezo ekyʼomuliro ogwʼamaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda. Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza. Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era nʼomusaayi gwʼendagaano ogunaazaako ebibi nʼaguyisa ngʼogwa bulijjo, era nʼanyoomoola Omwoyo owʼekisa, talibonerezebwa nʼobukambwe obusingawo? Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama yʼaliramula abantu be.” Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!

Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene ekyʼabajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu nʼekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga nʼokugumiikiriza embiro ezʼempaka ezatutegekerwa,

Temunnalwanagana na kibi okutuusa ne kukuyiwa omusaayi!

Mufubenga okuba nʼemirembe nʼabantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama.

Obufumbo mubussangamu ekitiibwa nʼebirayiro byabwo, kubanga abakaba nʼabenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.

Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bwʼalimala okusiimibwa aliweebwa engule eyʼobulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala. Omuntu yenna bwʼakemebwanga, tagambanga nti, “Katonda ye yankemye,” kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu nʼomu. Naye buli muntu akemebwa ngʼokwegomba kwe okubi, bwe kuli, nʼasendebwasendebwa. Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, nʼekibi bwe kikula ne kizaala okufa. Noolwekyo, abooluganda abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga.

Kale mulekenga emize gyonna, nʼekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize nʼobuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe. Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba.

Era omuntu akwata amateeka gonna, naye nʼasobyako erimu, omusango gumusinga mu ngeri yʼemu ngʼoli asobezza amateeka gonna.

Kiki ekireeta entalo nʼokulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala? Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba nʼobuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba.

Mmwe abenzi temumanyi ngʼokuba mikwano gyʼensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bwʼalondawo okuba mukwano gwʼensi afuuka mulabe wa Katonda. Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira nʼokwagala okujjudde obuggya”? Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti, “Katonda alwana nʼabʼamalala naye abawombeefu abawa ekisa.” Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi bʼebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, nʼessanyu lifuuke okunakuwala. Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme okwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bwʼosalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango. Oyo yekka eyateeka amateeka yʼasala omusango. Era yʼasalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?

Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.

omuntu oyo akomyawo munne eri Katonda, aba awonyezza omwoyo gwa munne okufa era ngʼamuleetedde nʼokusonyiyibwa ebibi byonna.

Mugonderenga Katonda, kubanga muli baana be, muleme kufugibwa okwegomba kwammwe okubi okwʼedda, kwe mwatambulirangamu mu butamanya. Kale, nga Katonda eyabayita bwʼali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”

Kale mukomye buli ngeri yonna eyʼettima, nʼobulimba bwonna, nʼobukuusa, nʼobuggya, nʼokwogera ekibi kwonna.

Abaagalwa, mutegeerere ddala nti Ku nsi kuno muli bayise. Kyenva mbeegayirira mwewale okwegomba kwʼomubiri, kubanga kulwanagana nʼomwoyo.

Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olwʼebiwundu bye, mwawonyezebwa. Kubanga mwali muwabye ngʼendiga, naye kaakano mukomezebbwaawo eri Omusumba era alabirira obulamu bwammwe.

Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olwʼebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lwʼabatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka nʼabeera mulamu mu mwoyo.

Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mumalirire okubonaabona nga ye. Kubanga abonaabona mu mubiri aba takyafugibwa kibi. Okuva kaakano nga muli mu nsi muno, mugoberere ebyo Katonda byʼayagala, so si kugoberera kwegomba kwammwe okwʼomubiri. Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obwʼomwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala.

balibafunamu amagoba mangi nga bakozesa ebigambo ebyʼobulimba olwʼomululu gwabwe. Abo Katonda yabasalira dda omusango era nʼokuzikirizibwa kwabwe tekubuusibwabuusibwa. Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olwʼokusalirwako omusango.

Mukama amanyi okuwonya nʼokuggya mu kugezesebwa abamutya, nʼabonereza abatali bakkiriza okutuusa ku lunaku olwʼokusalirako omusango, nʼokusingira ddala abo abagoberera okwegomba kwabwe okwʼomubiri ne banyooma abakulembeze baabwe. Tebaliiko kye batya, beerowoozaako bokka, era tebakwatibwa na nsonyi kuvuma baakitiibwa.

Balina amaaso agajjude obukaba, tebalekaayo kukola kibi buli kiseera boonoona era basendasenda abatali banywevu, bajjudde omululu. Baana abaakolimirwa,

Olugero olwagerebwa kyeluva lutuukirira ku bo olugamba nti, “Embwa eridde ebisesemye byayo,” na luno nti: “Embizzi eva okunaazibwa ezzeeyo okwekulukuunya mu bitosi.”

Ekisooka, mutegeerere ddala nga mu nnaku ezʼoluvannyuma abantu abagoberera okwegomba kwʼomubiri gwabwe balijja mu mmwe nga babasekerera,

Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima. Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bwʼali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, nʼomusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna. Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era nʼamazima tegaba mu ffe. Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa nʼokutunaazaako obutali butuukirivu bwonna. Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga nʼekigambo kye tekiri mu ffe.

Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bwʼakolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu. Ye, ye mutango olwʼebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lwʼebibi byʼabantu bonna. Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera. Kyokka oyo agamba nti amutegeera nʼatakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima. Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ngʼokwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye. Oyo agamba nti Ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.

Kyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mwʼatambulira, nga tategeera gyʼalaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.

Baana bange abaagalwa, mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olwʼerinnya lye.

Temwagalanga nsi, wadde ebyʼensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe. Kubanga buli ekyʼensi: okwegomba kwʼomubiri, nʼokwegomba kwʼamaaso, nʼokwekuluntaza okwʼobulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi. Ensi nʼokwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda byʼayagala abeerera emirembe gyonna.

Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu. Naye mmwe mumanyi nti ye, yalabisibwa alyoke aggyewo ebibi. Era mu ye, temuliimu kibi. Era tewali nʼomu abeera mu ye ate ne yeeyongera okukola ekibi. Wabula oyo eyeeyongera okukola ekibi tamutegeeranga, era tamumanyi nʼakatono. Abaana abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga muntu nʼomu; Buli akola ebyʼobutuukirivu aba mutuukirivu, nga Katonda bwʼali omutuukirivu, naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani. Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda. Ku kino abaana ba Katonda nʼaba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda.

Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye.

Buli alina ebintu ebyʼomu nsi nʼalaba muganda we nga yeetaaga, naye nʼabulwako kyʼamuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye?

Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti Ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, nʼawaayo Omwana we ngʼomutango olwʼebibi byaffe.

Omuntu yenna bwʼalaba muganda we ngʼagudde mu kibi ekitali kya kufa, amusabirenga, Katonda talirema kumuwa bulamu. Njogera ku abo bokka abagwa mu kibi ekitali kya kufa. Buli ekitali kya butuukirivu kibi, naye waliwo ekibi ekitaleetera muntu kufa. Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani nʼatamukola kabi.

Buli asukka ku ebyo Kristo byʼayigiriza nʼatabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe nʼOmwana. Omuntu yenna bwʼajja gye muli, nʼatayigiriza bwʼatyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, nʼokulamusa temumulamusanga. Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.

Alireeta abantu bonna mu maaso ge basalirwe omusango mu bwenkanya olwʼebikolwa byabwe bonna abatatya Katonda, bye baakola mu bugenderevu, nʼolwʼebigambo byonna ebizibu abakozi bʼebibi bye bamwogeddeko ebyʼobutatya Katonda.”

Beemulugunya, era bakola buli kye beegomba, era nga boogerera waggulu ebigambo ebyʼokweraga; era olaba bassizzaamu omuntu ekitiibwa ngʼomanya nti Balina kye bamwagalako.

Noolwekyo weenenye, bwʼotookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo nʼekitala ekyʼomu kamwa kange.

Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe.

Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ngʼoyokya oba ngʼonnyogoga. Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange.

Era tebeenenya butemu bwabwe, wadde obulogo, wadde obwenzi, wadde obubbi bye baakolanga.

Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo muleme kwegatta mu bibi bye, muleme kubonerezebwa wamu naye. Kubanga ebibi bye bingi nnyo, era bituuse ne mu ggulu, era Katonda ajjukira obutali butuukirivu bwe.

Awo ne ndaba entebe eyʼobwakabaka enjeru nʼOyo eyali agituddeko. Ensi nʼebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. Ne ndaba abafu abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, nʼekitabo ekirala kyʼekitabo ekyʼobulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ngʼebikolwa bye bwe byali.

Naye abo ababi nʼabatakkiriza nʼabagwagwa, nʼabassi, nʼabenzi, nʼabalogo nʼabasinza ebifaananyi, nʼabalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja eyʼomuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo ekyʼobulamu ekyʼOmwana gwʼEndiga.

Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era nʼomugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, nʼabatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.

Ebweru wʼekibuga yʼebeera embwa, nʼabalogo, nʼabenzi, nʼabassi, nʼabasinza bakatonda abalala nʼabo bonna abaagala era abakola ebyʼobulimba.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net