19 – Ekkanisa

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Ekkanisa.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”

Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne. Na buli ayagala okuba owʼolubereberye mu mmwe aweerezenga banne ngʼomuddu waabwe. Mube nga Omwana wʼOmuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, nʼokuwaayo obulamu bwe okununula abangi.”

Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda nʼobuvumu. Abakkiriza bonna baalina omwoyo gumu nʼomutima gumu; nga tewali agamba nti Kino kye nnina kyange ku bwange, wazira nga bonna bagabanira wamu. Awo abatume ne babuulira nnyo nʼamaanyi mangi ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna ne bajjula ekisa kingi. Mu bo temwali baali mu kwetaaga, kubanga abo abaalina ettaka oba amayumba, baabitundanga, ensimbi ezivudde mu bye batunze ne bazireeta ku bigere byʼabatume bagabireko buli muntu ngʼokwetaaga kwe bwe kwalinga.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 313 ebitundu

Nʼatya nnyo, nʼagamba nti, “Ekifo kino nga kyantiisa! Ekifo kino ye nnyumba ya Katonda, era guno gwe mulyango gwʼeggulu.”

Era ejjinja lino lye nsimbye okuba empagi liriba nnyumba ya Katonda, era nʼebyo byonna byʼompa ndikuwaako ekimu ekyʼekkumi.”

Emisana Mukama yabakulemberanga ngʼali mu mpagi eyʼekire okubalaga ekkubo, nʼekiro ngʼali mu mpagi eyʼomuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana nʼekiro. Empagi eyʼekire eyʼemisana, nʼempagi eyʼomuliro eyʼekiro tezaggibwawo mu maaso gʼabantu obudde bwonna.

Kale, singa mugondera eddoboozi lyange awatali kwerekeramu, ne mukuuma endagaano yange, mulibeera eggwanga lyange eryʼenjawulo egganzi mu mawanga gonna, kubanga ensi yonna yange. Munaabeeranga obwakabaka bwange obwa bakabona, era eggwanga ettukuvu.’ Ebyo bye bigambo byʼojja okutegeeza abaana ba Isirayiri.”

Ne bakabona, abasemberera Mukama, nabo basaana beetukuze, kubanga Mukama ayinza okubasaanyaawo.”

bankolere ekifo ekitukuvu ndyoke mbeerenga wakati mu bo.

Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi eyʼekire nʼekka nʼeyimirira mu mulyango gwʼEweema; Mukama nʼalyoka ayogera ne Musa. Abantu bwe baalabanga ngʼempagi eyʼekire eyimiridde mu mulyango gwʼEweema, bonna ne basituka ne basinza, buli omu mu mulyango gwʼeweema ye. Bwʼatyo Mukama bwe yayogeranga ne Musa nga batunulaganye, ngʼomuntu bwʼayogera ne mukwano gwe. Musa bwe yaddangayo mu lusiisira, omuweereza we, omuvubuka Yoswa mutabani wa Nuuni, ye nʼasigalayo mu Weema.

“Ggwe ne batabani bo bwe muyingiranga mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu temunywanga wayini oba ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza; bwe mulikikola temulirema kufa. Eryo linaabanga tteeka eryʼenkalakkalira ne mu mirembe gyonna egigenda okujja. Mwawulengamu ebitukuvu nʼebyabulijjo, ebirongoofu nʼebitali birongoofu;

Ku lunaku Weema ya Mukama eyʼEndagaano lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi okutuusa ku makya ekire ekyali waggulu wa Weema ne kifaanana ngʼomuliro. Bwe kityo bwe kyabeeranga; ekire kyagibikkanga emisana naye ekiro ne kifaanana ngʼomuliro.

Sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayiri mu Misiri, ne leero. Ntambudde okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga mbeera mu weema.

“Bino bye bikwata ku yeekaalu eno gyʼozimba; bwʼonootambuliranga mu mateeka gange, nʼogondera ebiragiro byange, nʼokwatanga nʼamateeka gange gonna ngʼogatambuliramu, kale ndituukiriza ekigambo kye nayogera eri Dawudi kitaawo. Era nnaabeeranga wamu nʼabaana ba Isirayiri, so siryabuulira bantu bange Isirayiri.”

Awo bakabona bwe baava mu kifo ekitukuvu, ekire ne kibuna yeekaalu ya Mukama, bakabona nʼokuyinza ne batayinza kuweereza olwʼekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kibunye mu yeekaalu.

Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba yeekaalu ya Mukama nʼolubiri lwe, nʼokuzimba ebyo byonna bye yasiima,

Awo Kirukiya kabona asinga obukulu nʼategeeza Safani omuwandiisi nti, “Ekitabo ekyʼAmateeka nkizudde we kibadde mu yeekaalu.” Nʼakiwa Safani nʼakisoma.

Ate era yamenyaamenya nʼennyumba ezʼabaalyanga ebisiyaga ezaali mu yeekaalu ya Mukama, era eyo abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.

Kaakano mumalirire mu mitima gyammwe ne mu mmeeme zammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe. Mutandike okuzimba awatukuvu wa Mukama, nʼoluvannyuma muleete essanduuko eyʼendagaano ya Mukama, nʼebintu ebitukuvu ebya Katonda mu yeekaalu eneezimbibwa ku lwʼerinnya lya Mukama.”

Awo abaafuuwanga amakondeere nʼabayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi eryʼawamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba nʼebitaasa, nʼebivuga ebirala nga bayimba nti, “Mulungi, kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe nʼemirembe.” Awo yeekaalu ya Mukama nʼejjula ekire. Bakabona ne batasobola kukola mulimu gwabwe ogwʼobuweereza olwʼekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula yeekaalu ya Mukama.

Awo Sulemaani bwe yamaliriza esaala ye, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka era nʼekitiibwa kya Mukama ne kijjula eyeekaalu. Bakabona ne batayinza kuyingira mu yeekaalu ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula eyeekaalu ya Mukama. Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, nʼekitiibwa kya Mukama nga kiri ku yeekaalu, ne bavuunama ku lubalaza ngʼamaaso gaabwe gatunudde wansi ne basinza era ne beebaza Mukama nga boogera nti, “Mulungi, era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

Nʼateeka nʼabaggazi ku wankaaki za yeekaalu ya Mukama, waleme okubaawo omuntu yenna atali mulongoofu ayingira.

So temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali, naye mukkakkane eri Mukama, mujje mu watukuvu we, we yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, obusungu bwe bubaveeko.

Nʼalagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo nga bwe kyali kibagwanira eri bakabona nʼAbaleevi, nabo beeweerengayo ddala nga bwe kyalagirwa mu tteeka lya Mukama.

Awo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe nʼayogera nabo ngʼayita mu babaka be, ngʼasaasira abantu be nʼekifo mu abeera.

Ne basoma mu Kitabo kyʼAmateeka ga Katonda, nga bataputa, era nga bannyonnyola amakulu, abantu bategeere ebyasomebwa.

Abantu ba Isirayiri okwo nga kwʼotadde nʼAbaleevi, banaaleetanga ebirabo byabwe ebyʼemmere eyʼempeke, ne wayini omuggya, nʼomuzigo mu mawanika, ebintu ebyʼomu kifo ekitukuvu gye biterekebwa, era bakabona abaweereza, nʼabakuuma wankaaki nʼabayimbi gye babeera.” “Tetuulagajjalirenga nnyumba ya Katonda waffe.”

Abatukuvu abali mu nsi be njagala era mu bo mwensanyukira.

Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda; nnaakutenderezanga mu kibiina kyʼabantu.

Ddala ddala obulungi nʼokwagala okutaggwaawo binaagendanga nange ennaku zonna ezʼobulamu bwange; nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama, ennaku zonna.

Ekintu kimu kye nsaba Mukama, era ekyo kye nnoonya: okubeeranga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ezʼobulamu bwange, ne ndabanga obulungi bwa Mukama, era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.

Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo. Obakulemberenga ngʼomusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.

Kale tutendereze Mukama, ffenna tugulumizenga erinnya lye.

Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange nga bwe nagendanga nʼekibiina ekinene, ne nkulembera ennyiriri zʼabantu empanvu, nga tugenda mu nnyumba ya Katonda, nga tuyimba mu ddoboozi eryʼomwanguka nʼokwebaza mu kibiina ekijaguza.

Alina omukisa oyo gwʼolonda nʼomusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo. Tunaamalibwanga ebirungi ebyʼomu nnyumba yo; ebyʼomu Yeekaalu yo entukuvu.

Katonda afunira abatalina we babeera ekifo ekyʼokubeeramu, aggya abasibe mu kkomera nʼabagaggawaza; naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

Kale nno, ffe abantu bo era endiga ezʼomu ddundiro lyo, tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna; buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.

Ya Mukulu wʼAbayimbi, Zabbuli ya Batabani ba Koola Eweema zo nga nnungi, Ayi Mukama owʼEggye! Omwoyo gwange guyaayaana, gwagala na kuzirika, olwʼempya za Mukama, omutima gwange nʼomubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu. Weewaawo, ne nkazaluggya yeekoledde ekisu, nʼakataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo awo okumpi nʼEbyoto byo, Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange. Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo, banaakutenderezanga.

Okumala olunaku olumu mu mpya zo, kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange, okusinga okubeeranga mu weema zʼabakola ebibi.

Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olwʼabatukuvu; era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.

Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama. Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.

Mutendereze Mukama! Nneebazanga Mukama nʼomutima gwange gwonna, mu lukiiko lwʼabalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Nasanyuka bwe baŋŋamba nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama!”

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani Mukama bwʼatazimba nnyumba, abo abagizimba bazimbira bwereere. Mukama bwʼatakuuma kibuga, abakuumi bateganira bwereere.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa, abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.

Mutendereze Mukama! Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, mumutenderereze wamu nʼekibiina kyʼabatukuvu.

Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu, ne bwʼalikula talirivaamu.

Ngʼekyuma bwe kiwagala ekyuma, nʼomuntu bwʼabangula muntu munne.

Weekuume ngʼoyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera nʼokumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ngʼezʼabasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.

Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe empanvu ngʼagulumizibbwa, nʼekirenge kyʼekyambalo kye nga kijjula yeekaalu.

Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ngʼabuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?” Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!” Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti, ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga, nʼokulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’

Mugende, mugende muveewo awo. Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu. Mukifulumemu mubeere balongoofu mmwe abasitula ebyombo bya Mukama.

Nʼabo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama, okumuweereza era nʼokwagala erinnya lya Mukama era nʼokubeera abaweereza be, abakwata ssabbiiti ne batagyonoona era ne banyweza endagaano yange, bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange eyʼokusabiramu. Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange. Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu eri amawanga gonna.”

Era ndibawa abasumba abakola ngʼomutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera.

“Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga zʼekisibo kyange!” bwʼayogera Mukama. Noolwekyo, bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olwʼebibi bye mukoze,” bwʼayogera Mukama. “Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi. Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe nʼomu abula,” bwʼayogera Mukama.

“Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda, ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,” bwʼayogera Mukama.

“Omwana wʼomuntu, nkufudde omukuumi wʼennyumba ya Isirayiri, era buli lwʼonoowuliranga ekigambo kye nnaayogeranga, balabulenga. Bwe ŋŋamba atali mutuukirivu nti, ‘Mazima tolirema kufa,’ nʼotamulabula newaakubadde okwogera naye ngʼomulabula alekeyo engeri ze ezitali za butuukirivu asobole okuwonya obulamu bwe, omuntu oyo atali mutuukirivu alifa olwʼobutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe. Naye bwʼolirabula omuntu atali mutuukirivu, nʼatalekaayo obutali butuukirivu, newaakubadde engeri ze embi, alifa olwʼekibi kye, naye obulamu bwo bulilokolebwa.” “Ate era bwʼalireka ebikolwa bye ebyʼobutuukirivu nʼakola ebibi, ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa. Olwʼokubanga tewamulabula, alifa olwʼekibi kye. Ebikolwa ebyʼobutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa, era ndikuvunaana olwʼomusaayi gwe. Kyokka bwʼolabulanga omutuukirivu obutayonoona, nʼatayonoona, ddala ddala aliba mulamu kubanga yawulira okulabula kwo, era naawe oliba weerokodde.”

Bakabona baakyo bajeemedde amateeka gange era boonoonye ebintu byange ebitukuvu; tebaawuddeemu bitukuvu na bya bulijjo; bayigiriza nti tewali njawulo wakati wa bitali birongoofu nʼebirongoofu, so tebassaayo mwoyo okukuuma Ssabbiiti zange, ne banswaza Nze mu bo.

“Omwana wʼomuntu, yogera ebyobunnabbi eri abasumba ba Isirayiri, obagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isirayiri abeefaako bokka. Abasumba tebasaanye kuliisa ndiga? Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye temufaayo ku bisibo. Ennafu temuzizzaamu maanyi, so nʼendwadde temuzijjanjabye, so nʼezirumizibbwa temusibye biwundu byazo, so nʼezibuze temuzikomezzaawo, naye muzifuze nʼamaanyi. Kyezaava zisaasaana, kubanga tezaalina musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo enkambwe zonna ezʼomu nsiko. Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.

“ ‘Noolwekyo mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama: Nga bwe ndi omulamu, bwʼayogera Mukama Katonda, olwʼendiga zange okufuuka omuyiggo, nʼekyokulya eri ensolo enkambwe zonna, kubanga tezirina musumba, ate era nʼabasumba ne batazinoonya, naye ne beefaako bokka, ne bataliisa ndiga zange, kale mmwe abasumba muwulire ekigambo kya Mukama; Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Nnina ensonga ku basumba, era ndibavunaana olwʼekisibo kyange. Ndibaggyako okulabirira endiga mulekeraawo okuzifuula ekyokulya. Ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe, zireme okuba ekyokulya kyabwe.

“ ‘Mukama Katonda kyava abagamba nti, Laba, nze kennyini ndisala omusango wakati wʼendiga ensava nʼendiga enkovvu. Kubanga mwewaana nga muyimusa ebifuba ne musindikiriza ennafu zonna ne muzitomera nʼamayembe gammwe okutuusa lwe muzifulumya ebweru, Ndiwonyawo ekisibo kyange so teziriba nate muyiggo. Ndisala omusango mu bwenkanya wakati wʼendiga nʼendiga.

Ndiziwa omusumba omu, omuweereza wange Dawudi, alizirunda; alizirabirira era aliba musumba waabwe.

Ekifo kyange ekyʼokubeeramu kinaabeeranga mu bo. Nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange.

Awo omusajja nʼankulembera ne tuyita mu kkubo eryʼomulyango ogwʼObukiikakkono nʼantwala mu maaso ga yeekaalu. Ne ntunula ne ndaba ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde yeekaalu ya Mukama, ne nvuunama.

Banaayigirizanga abantu bange enjawulo wakati wʼekitukuvu nʼekitali kitukuvu, era nga babalaga enjawulo wakati wʼekirongoofu nʼekitali kirongoofu.

Awo ku lunaku lwʼanaalaganga mu luggya olwʼomunda olwa watukuvu okuweereza mu watukuvu, aneweerangayo ekiweebwayo olwʼekibi, bwʼayogera Mukama Katonda.”

Ekyo kye kiriba ekifo ekitukuvu ekya bakabona abaweereza mu watukuvu, era abasemberera Mukama okumuweereza. Kye kiriba ekifo ekyʼennyumba zaabwe nʼekigo ekitukuvu ekyʼAwatukuvu.

“Awo olulituuka oluvannyuma lwʼebyo, ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza ebyʼomu maaso; abakadde baliroota ebirooto, nʼabavubuka bammwe balyolesebwa. Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja nʼabakazi.

Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna nga tasoose kukibikkulira baweereza be, bannabbi.

Ndikankanya amawanga gonna, nʼamawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye. ‘Effeeza yange, ne zaabu yange,’ bwʼayogera Mukama owʼeggye. ‘Ekitiibwa ekyʼennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa kyʼeri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.”

“Kubanga emimwa gyʼabasumba gisaana okukuuma ebyʼamagezi ebya Katonda era abantu basaana okunoonya okutegeera okuva mu bo, kubanga be babaka ba Mukama owʼEggye.

Muleete ekimu ekyʼekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bwʼayogera Mukama owʼEggye, “obanga siribaggulirawo ebituli ebyʼomu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya.

Awo Yesu, nʼabagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi bʼabantu.”

Yesu nʼabuna wonna mu Ggaliraaya ngʼayigiriza mu makuŋŋaaniro gʼAbayudaaya ngʼabuulira Enjiri eyʼobwakabaka obwʼomu ggulu, era ngʼawonya buli ndwadde yonna nʼobuyongobevu bwonna mu bantu.

Era bwe musabanga temuddiŋŋananga mu bigambo oba okwogera ebigambo enkumu ngʼabatamanyi Katonda bwe bakola nga balowooza nti Bwe banaddiŋŋana mu bigambo emirundi nʼemirundi okusaba kwabwe lwe kunaddibwamu.

Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda nʼobutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako.

“Mwekuume abayigiriza abʼobulimba, abajja nga bambadde amaliba gʼendiga, songa munda gyʼemisege egigenda okubataagulataagula.

Yesu nʼagenda ngʼayita mu bibuga byonna ebyʼomu kitundu ekyo, ne mu byalo ngʼayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ngʼabuulira Enjiri eyʼobwakabaka. Era buli we yatuukanga nʼawonya abalwadde nʼabakoozimbye bonna. Awo bwe yatunuulira ekibiina kyʼabantu nga bajja gyʼali, nga bakooye nnyo, era nga basaasaanye ngʼendiga ezitalina musumba, nʼabasaasira nnyo. Nʼagamba abayigirizwa be nti, “Ebyʼokukungula bingi nnyo, naye abakozi abakungula batono. Noolwekyo musabe nannyini nnimiro aweereze abakunguzi mu nnimiro ye.”

Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri, ne bajja gyʼali nʼabawa obuyinza okugobanga baddayimooni, nʼokuwonyanga buli ndwadde nʼokukozimba ebya buli ngeri.

Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.

“Mwekuume abantu! Kubanga balibawaayo eri enkiiko zʼAbakadde, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe, ne babakuba emigo.

“Buli abasembeza, aba asembezezza Nze, ate asembeza Nze aba asembezezza oyo eyantuma. Oyo asembeza nnabbi mu linnya lya nnabbi, alifuna empeera yʼemu nga nnabbi. Era buli anaasembezanga omuntu omutuukirivu mu linnya lyʼomuntu omutuukirivu, alifuna empeera yʼemu ngʼeyʼomutuukirivu. Ddala ddala mbagamba nti buli aliwa omu ku baana bano abato egiraasi yʼamazzi agannyogoga olwʼerinnya lyʼomuyigiriza talibulwa mpeera ye nʼakatono.”

nʼaddayo mu kibuga kyʼewaabwe nʼayigiriza mu kuŋŋaaniro lyabwe. Nʼabeewuunyisa ne bagamba nti, “Yaggya wa amagezi nʼebyamagero ebyo?”

Era nkutegeeza nti, Ggwe Peetero, olwazi, era ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekkanisa yange, nʼamaanyi gonna aga Setaani tegaligiwangula. Era ndikuwa ebisumuluzo byʼobwakabaka obwʼomu ggulu; era kyonna kyʼonoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli kyʼonoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga.”

“Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bwʼaba nʼendiga ze ekikumi, emu nʼemubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi nʼagenda anoonya eri emu ebuze? Ddala ddala mbagamba nti, bwʼagiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitabuze.

“Muganda wo bwʼakusobyanga ogendanga gyʼali nʼomutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bwʼakkirizanga nʼakwetondera olwo ngʼoggyeemu omuntu mu muganda wo. Naye bwʼagaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bwʼabantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. Naye bwʼagaananga okubawuliriza ngʼensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza wʼomusolo.

Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”

Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne. Na buli ayagala okuba owʼolubereberye mu mmwe aweerezenga banne ngʼomuddu waabwe. Mube nga Omwana wʼOmuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, nʼokuwaayo obulamu bwe okununula abangi.”

Awo Yesu nʼayingira mu Yeekaalu nʼagobamu abasuubuzi bonna nʼavuunika emmeeza zʼabaali bawaanyisa ensimbi nʼentebe zʼabaali batunda amayiba. Nʼabagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku yʼabanyazi.’”

Awo abazibe bʼamaaso nʼabalema ne bajja gyʼali mu Yeekaalu nʼabawonya. Naye bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka bwe baalaba ebyʼekitalo bye yakola, nʼabaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga.

“Temweyitanga ‘Labbi,’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda. Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo. Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo. Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe. Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.

Kubanga bakristo abʼobulimba balijja ne bannabbi abʼobulimba nabo balijja ne bakola ebyamagero ebyʼekitalo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye nʼabalonde ba Katonda.

nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’

Era laba! Eggigi lyʼomu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi nʼekankana, nʼenjazi ne zaatika.

Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo nʼokutuukira ddala ensi lwʼeriggwaawo.”

Awo nʼabuulira mu makuŋŋaaniro agʼomu kitundu kyonna ekyʼe Ggaliraaya, era nʼagoba ne baddayimooni. Awo omugenge nʼajja eri Yesu ne yeegayirira ngʼafukamidde mu maaso ge, nʼamugamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okunnongoosa.” Yesu nʼamusaasira, nʼagolola omukono gwe, nʼamukwatako, nʼamugamba nti, “Nsiimye, longooka!”

Nʼalonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. Nʼabawa nʼobuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi nʼababiri be yalonda be bano:

Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka nʼagenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bwʼayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, “Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa nʼebyʼamagero ebyenkanidde wano byʼakola?”

Okusinza kwabwe tekuliimu nsa; kubanga bayigiriza bulombolombo bwabwe.’ Muleka ebiragiro ebiva eri Katonda ne mugoberera obulombolombo bwʼabantu.” Nʼabagamba nate nti, “Munyooma ekiragiro kya Katonda, ne muggumiza obulombolombo bwammwe.

Bwe mutyo munyooma ekigambo kya Katonda mulyoke mutuukirize obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. Nʼebirala bingi ebiri ngʼebyo bye mukola.”

Buli abawa eggiraasi yʼamazzi okunywako mu linnya lyange kubanga muli bantu ba Kristo, ddala ddala mbagamba nti Talirema kuweebwa mpeera.”

Bwe baatuuka mu Yerusaalemi nʼayingira mu Yeekaalu, nʼatandika okugobamu abaali batundiramu nʼabaali baguliramu, nʼavuunika emmeeza zʼabaali bawaanyisa ensimbi, nʼavuunika nʼentebe zʼabatunzi bʼamayiba. Era nʼataganya muntu kuyisa kintu kyonna. Nʼabayigiriza ngʼagamba nti, “Tekyawandiikabwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabiramu amawanga?’ Naye mmwe mugifudde mpuku yʼabanyazi.”

Yesu nʼamuddamu nti, “Ebizembe ebyo ebyʼekitalo obiraba? Ne bwe kiriba ki tewaliba jjinja na limu wano eririsigala ku linnaalyo.”

“Mwekuume mmwe. Balibaawo mu mbuga zʼamateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali.

Eggigi eryʼomu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuviira ddala waggulu okutuuka wansi.

Nʼabagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna. Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga. Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya. Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.”

Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama nʼabeeranga nabo, nʼanywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ngʼabakozesanga ebyʼamagero.

Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, nʼagenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. Nʼayimuka okusoma.

Ne beewuunya nnyo okuyigiriza kwe. Kubanga yayogeranga nga nnannyini buyinza. Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko dayimooni nʼatandika okuwowoggana nti, “Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu owʼe Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.” Yesu nʼamuboggolera ngʼagamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni nʼasuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, nʼamuvaako nga tamulumizza. Buli muntu nʼatya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira nʼobuyinza nʼamaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.”

Yesu ne yeeyongera okubuulira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Buyudaaya.

Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo. Yesu nʼamuddamu nti, “Totya! Okuva kaakano ojjanga kuvuba myoyo gya bantu.”

Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ngʼayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu nʼomusajja eyalina omukono ogukaze.

Omuyizi tasaana kusinga amuyigiriza, kyokka bwʼaba ngʼatendekeddwa bulungi, buli muntu aliba ngʼomusomesa we.”

Awo olunaku lwali lumu Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri bonna awamu, nʼabawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu nʼokuwonya endwadde. Nʼabatuma bagende bategeeze abantu ebigambo byʼobwakabaka bwa Katonda era bawonye nʼabalwadde.

Naye munoonye obwakabaka bwe, nʼebintu ebyo mulibyongerwako. “Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka.

Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ngʼayigiriza mu kkuŋŋaaniro, ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola. Yesu nʼamulaba, nʼamuyita nʼamugamba nti, “Mukazi wattu, owonyezeddwa obulwadde bwo.” Nʼamukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola nʼayimirira bulungi, nʼatendereza Katonda! Naye omukulembeze wʼekkuŋŋaaniro eryo nʼanyiiga nnyo, kubanga Yesu yawonya ku lunaku lwa Ssabbiiti. Nʼagamba ekibiina nti, “Mu wiiki mulimu ennaku mukaaga, muyinza okujjanga mu nnaku ezo ne muwonyezebwa, naye so si ku Ssabbiiti!”

“Singa omu ku mmwe abadde alina endiga kikumi, naye emu nʼemubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale nʼagenda anoonya eri ebuze okutuusa Lwʼagiraba? Bwʼagiraba, agisitula ku bibegabega bye nʼagitwala eka ngʼajaguza. Bwʼatuuka eka ayita mikwano gye ne baliraanwa be bajje ngʼagamba nti, ‘Munsanyukireko kubanga endiga yange eyabadde ebuze, erabise.’ Mu ngeri yʼemu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olwʼomwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”

Mwekuume. “Muganda wo bwʼayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga.

kubanga enjuba yalekeraawo okwaka. Amangwago eggigi lyʼomu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri.

Ne bamusinza, ne baddayo mu Yerusaalemi nga bajjudde essanyu lingi. Ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo nga batendereza Katonda.

Awo Yesu nʼaddira emiguwa nʼagifunyaafunya ne giba ngʼembooko nʼagobawo endiga nʼente, nʼasaasaanya nʼensimbi ezʼabaali bawaanyisa, nʼavuunika nʼemmeeza zaabwe. Nʼakyukira abaali batunda amayiba nʼabagamba nti, “Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale.” Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, “Obuggya bwʼEnnyumba yo, Ayi Mukama, bulindya.”

Yesu nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa nʼomusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe.

Nnina nʼendiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba nʼomusumba omu.

“Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”

Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro, era ekiseera kijja buli anaabattanga nʼalowooza nti Aweereza Katonda. Ebyo balibibakola kubanga Kitange tebaamumanya, era nange tebammanyi.

Nze sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi, ate nga nzija gyʼoli. Kitange Omutukuvu, be wampa bakuume mu linnya lyo, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu.

Si ba nsi nga nange bwe siri wa nsi. Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima.

bonna babeere bumu, nga ggwe Kitange bwʼoli mu Nze, nange nga ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma. Mbawadde ekitiibwa kye wampa, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu.

Bwe baamala okulya, Yesu nʼagamba Peetero nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okusinga bano?” Peetero nʼaddamu nti, “Ddala, omanyi nga nkwagala nnyo.” Yesu nʼamugamba nti, “Kale liisanga abaana bʼendiga zange.” Yesu nʼamubuuza omulundi ogwokubiri nti, “Simooni omwana wa Yokaana, ddala onjagala?” Peetero nʼaddamu nti, “Ddala, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu nʼamugamba nti, “Kale lundanga endiga zange.” Yesu nʼabuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala?” Peetero nʼanakuwala kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” Peetero nʼamuddamu nti, “Mukama wange ggwe omanyi buli kimu, omanyi nga nkwagala.” Yesu nʼamugamba nti, “Kale liisanga endiga zange.

Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bwʼalimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero zʼensi.”

Abo bonna ne beeweerayo ddala nʼomutima gumu okusaba wamu nʼabakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu. Awo mu nnaku ezo, Peetero nʼayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, nʼayogera nti,

Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu. Amangwago okuwuuma, nga kuli ngʼempewo eyʼamaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde. Ku buli omu ne kutuulako ennimi ngʼezʼomuliro. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ezʼenjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.

Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ngʼenkumi ssatu. Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kwʼabatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba. Buli muntu nʼajjula okutya era ebyamagero bingi nʼobubonero bungi ne bikolebwanga abatume. Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna. Ebyʼobugagga byabwe nʼebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ngʼokwetaaga kwe bwe kwabanga. Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe nʼessanyu lingi nʼomutima ogutalina bukuusa, nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Mukama nʼabongerangako bulijjo abaalokolebwanga.

Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda nʼobuvumu. Abakkiriza bonna baalina omwoyo gumu nʼomutima gumu; nga tewali agamba nti Kino kye nnina kyange ku bwange, wazira nga bonna bagabanira wamu. Awo abatume ne babuulira nnyo nʼamaanyi mangi ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna ne bajjula ekisa kingi. Mu bo temwali baali mu kwetaaga, kubanga abo abaalina ettaka oba amayumba, baabitundanga, ensimbi ezivudde mu bye batunze ne bazireeta ku bigere byʼabatume bagabireko buli muntu ngʼokwetaaga kwe bwe kwalinga.

Entiisa eyʼamaanyi nʼebuna Ekkanisa yonna na buli muntu eyawulira ebigambo ebyo. Abatume ne baba nʼomwoyo gumu ne bakuŋŋaananga mu kisasi kya Sulemaani, ne bakola ebyamagero bingi mu bantu. So ne wataba nʼomu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, newaakubadde ngʼabantu bonna baabasiima nnyo. Abakkiriza bangi abasajja nʼabakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe. Abantu ne baleeta abalwadde baabwe ku nguudo zʼomu kibuga, ne babagalamizanga ku butanda ne ku bikeeka, ekisiikirize kya Peetero kibatuukeko ngʼazze. Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde nʼabaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.

Awo ne bayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku ne mu maka gʼabantu, nga babuulira Yesu.

Ffe tulyoke twemalire ku kusaba, nʼokubuulira nʼokuyigiriza.”

Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna nʼomuwendo gwʼabayigirizwa ne gweyongera obunene mu Yerusaalemi; era ne bakabona, ekibiina kinene, ne beewaayo okukkiriza. Suteefano, ngʼajjudde ekisa kya Katonda nʼamaanyi, nʼakolanga ebyamagero bingi nʼobubonero mu bantu. Naye abamu ku bʼomu kuŋŋaaniro abeeyitanga Abalibettino, nʼAbakuleene nʼAbalegezanderiya, nʼAbakirukiya nʼAbasiya, ne bawakana ne Suteefano. Kyokka tebaasobola kuwakanya magezi nʼOmwoyo bye yayogeza. Kyebaava baweerera abantu nga bagamba nti Twamuwulira ngʼayogera ebigambo ebivvoola Musa ne Katonda.

“Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bwʼagamba nti, ‘Eggulu yʼentebe yange eyʼobwakabaka. Nʼensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange. Mukama nʼagamba nti, Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki? Oba kifo ki mwe ndiwummulira?

Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika nʼamaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi. Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya.

Naye abakkiriza abadduka mu Yerusaalemi ne bagenda mu buli kifo nga babuulira Enjiri ya Yesu. Awo Firipo, nʼalaga mu kimu ku bibuga bya Samaliya nʼabuulira abantu Enjiri ya Kristo. Ebibiina ne bimuwuliriza nnyo kubanga abantu bonna baalaba ebyamagero bye yakola. Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye nʼabalema bonna ne bawonyezebwa; ekibuga ne kijjula essanyu.

Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ngʼayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ngʼabatiisatiisa okwagala okubatta, nʼatuukirira Kabona Asinga Obukulu, nʼamusaba awandiikire abʼomu makuŋŋaaniro agʼomu Damasiko ebbaluwa, ngʼebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja nʼabakazi bʼalisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi.

Awo Sawulo bwe yali atambula ngʼanaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala ekyʼamaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola. Nʼagwa wansi, nʼawulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?” Sawulo nʼabuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?” Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gwʼoyigganya! Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa kyʼosaanidde okukola.” Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa nʼekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ngʼeryʼomuntu naye nga tebalaba ayogera. Sawulo bwe yayimuka wansi nʼagezaako okutunula naye ngʼamaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko. Nʼamalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.

Amangwago Sawulo nʼatandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda. Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si yʼono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.” Sawulo ne yeeyongera okubuulira nʼamaanyi nʼasirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ngʼakakasa nti Yesu ye Kristo.

Bwe yatuuka e Yerusaalemi nʼagezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza. Naye Balunabba nʼamuleeta eri abatume nʼabategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era nʼayogera nga bwe yabuulira nʼobuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu. Ne balyoka bamukkiriza nʼabeeranga nabo, nʼayitanga nabo era ngʼalya nabo mu Yerusaalemi. Nʼabuuliranga nʼobuvumu erinnya lya Mukama waffe. Naye ne wabaawo okuwakana nʼokukubaganya ebirowoozo wakati we nʼAbakerenisiti, ne bagezaako okumutta.

Mu kiseera ekyo Ekkanisa nʼeba nʼemirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gwʼabantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu nʼabasanyusanga.

Nʼatutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu yʼoyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi wʼabantu bonna, abalamu nʼabafu.

Awo omukono gwa Mukama ne gubeera wamu nabo, Abaamawanga bangi ne bakkiriza ne bakyuka okudda eri Mukama.

bwe yamulaba nʼamuleeta mu Antiyokiya. Bombi ne babeera mu Antiyokiya okumala omwaka mulamba nga bakolera wamu nʼEkkanisa yaayo, ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Wano mu Antiyokiya abayigirizwa we baasookera okuyitibwa Abakristaayo.

Awo mu biro ebyo Kabaka Kerode nʼatandika okuyigganya abamu ku bakkiriza abʼomu Kkanisa. Nʼatta Yakobo muganda wa Yokaana nʼekitala. Bwe yalaba nga kyʼakoze kisanyusizza Abayudaaya, nʼakwata Peetero mu kiseera ekyʼEmbaga eyʼEmigaati Egitazimbulukuswa

Peetero nʼakuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa nʼenyiikira nnyo okumusabira eri Katonda. Ekiro ekyo, ngʼenkeera Kerode ategese okuwaayo Peetero, Peetero yali yeebase wakati wʼabaserikale babiri, ngʼasibiddwa nʼenjegere bbiri, nga ne ku mulyango gwʼekkomera kuliko abakuumi. Laba malayika wa Mukama nʼayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika nʼakuba ku Peetero mu mbiriizi nʼamuzuukusa ngʼamugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi.

Awo Pawulo ne Balunabba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba bakomewo ku Ssabbiiti eddirira bongere okubabuulira ku bigambo ebyo. Abayudaaya bangi awamu nʼabatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda. Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga nʼajja okuwulira ekigambo kya Katonda. Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya nʼokujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga. Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula nʼobuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti Obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga.

Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro lyʼAbayudaaya. Ne babuulira nʼamaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya nʼAbayonaani ne bakkiriza. Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda. Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira nʼobuvumu, era Mukama nʼakakasanga ekigambo kyʼekisa kye ngʼabawa okukola obubonero nʼebyamagero.

Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza.

Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya ekkanisa ne babategeeza ebyafa mu lugendo lwabwe, ne byonna Katonda bye yabakozesa, nʼAbamawanga nga bwe yabaggulirawo oluggi olwʼokukkiriza.

Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba nʼennyimba ezʼokutendereza Katonda, nga nʼabasibe abalala bawuliriza, amangwago ne wabaawo musisi owʼamaanyi ennyo. Emisingi gyʼekkomera ne ginyeenyezebwa, nʼenzigi zʼekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era nʼenjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri!

Abayudaaya bʼomu Beroya baali balungi okusinga abʼe Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi nʼessanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti Bya mazima. Era Abayudaaya bangi ne bakkiriza, nʼabakazi abʼekitiibwa Abayonaani bangi nʼabasajja, nabo ne bakkiriza.

Nʼabeeranga mu kkuŋŋaaniro buli lunaku ngʼakubaganya ebirowoozo nʼAbayudaaya nʼAbamawanga abatya Katonda, era nʼayogeranga eri abantu bonna abajjanga okumuwuliriza mu kibuga wakati okumpi nʼakatale.

Buli lwa Ssabbiiti Pawulo yabeeranga mu kkuŋŋaaniro ngʼamatiza Abayudaaya nʼAbayonaani.

Nʼatandika okubuulira nʼobuvumu mu kkuŋŋaaniro. Awo Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira, ne bamuyita mu maka gaabwe ne bamunnyonnyola bingi ebyʼEkkubo lya Katonda.

Pawulo nʼayingiranga mu kkuŋŋaaniro buli lwa Ssabbiiti ngʼabuulira nʼobuvumu bungi okumala emyezi esatu, nʼabategeezanga ekyo kyʼakkiriza era nʼensonga kyava akkiriza, nʼasendasenda bangi okukkiriza ebintu byʼobwakabaka bwa Katonda. Naye abamu ne bakakanyaza emitima gyabwe ne bagaana, ne batandika nʼokwogera obubi ku Kkubo mu bibiina. Pawulo nʼabaviira, nʼatwala abakkiriza, ne bakuŋŋaaniranga mu kisenge kyʼessomero lya Tulaano buli lunaku.

Mu kiseera ekyo ne wabaawo akasasamalo akʼamaanyi ku bigambo byʼekkubo.

Naye saalekayo kubabuulira bituufu ebyʼokubayamba, bwe twabanga tukuŋŋaanye oba bwe najjanga mu maka gammwe, nga ntegeeza Abayudaaya nʼAbayonaani okwenenya badde eri Katonda, nʼokuba nʼokukkiriza mu Mukama waffe Yesu.

Mwekumenga era mukuumenga nʼekisibo kyonna Mwoyo Mutukuvu mwe yabateeka okuba abalabirizi okulabiriranga Ekkanisa ya Katonda gye yeegulira nʼomusaayi gwe. Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo. Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga. Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana nʼekiro, ne mundeeta nʼamaziga.

Nayigganya abantu bʼEkkubo nʼokubatuusa ku kufa, ne nkwata abasajja nʼabakazi ne mbasibisa mu kkomera. Era Kabona Asinga Obukulu nʼabʼOlukiiko Olukulu be bajulirwa bange. Kubanga nabasaba bawandiikire bannaabwe mu Damasiko ebbaluwa okunnyamba nkwate abaali eyo mbaleete wano mu Yerusaalemi nga mbasibye mu njegere mbaweeyo babonerezebwe.

Naye waliwo ekintu kimu kye nzikiriza. Nsinza Katonda nga nzikiririza mu Kkubo, bano kye bayita enzikiriza endala. Nsinza Katonda nʼokumuweereza nga ngoberera empisa za bajjajjaffe nʼobulombolombo, nga bwe baabitegeka, era nzikiririza ddala mu mateeka gʼEkiyudaaya ne mu byonna ebyawandiikibwa mu bitabo bya bannabbi.

Awo Ferikisi, eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, nʼagamba Abayudaaya nti, “Lusiya, omuduumizi wʼabaserikale mu Yerusaalemi, bwʼalituuka ne ndyoka nsala omusango gwammwe.”

Nze Pawulo, omuddu wa Yesu Kristo, Mukama waffe Kristo, nayitibwa okuba omutume, eyayawulibwa okubuulira Enjiri ya Katonda,

Ebitonde birindirira nʼessuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa.

Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere byʼabo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.”

Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo. Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo. Tulina ebirabo, ngʼekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri eyʼenjawulo, oba bunnabbi, ngʼekigera kyʼokukkiriza bwe kiri, oba buweereza, mu buweereza, oba omu okuyigiriza, mu kuyigiriza; oba omulala okugumya banne mu kubazzaamu amaanyi, oba omulala mu kugaba, oba omulala, okufuga nʼobunyiikivu, nʼomulala okulaga ekisa nga musanyufu.

nga mwagalana mu kwagala okwʼabooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa,

kubanga nze ndi muweereza wa Kristo Yesu eri Abaamawanga, nga nkola obuweereza obutukuvu nga mbulira Enjiri ya Katonda, ekiweebwayo kyʼAbaamawanga kiryoke kikkirizibwe, nga kitukuzibbwa Mwoyo Mutukuvu.

Kaakano mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, era omuweereza wʼekkanisa eyʼomu Kenkereya. Mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era muyimirire naye nga mumuyamba mu nsonga yonna gye yeetaaga, kubanga naye yennyini yayamba bangi era nange kennyini. Mundabire Pulisikira ne Akula, bwe tukola omulimu mu Kristo Yesu, abeewaayo wakiri okutemwako emitwe olwʼobulamu bwange, era si beebaza bokka wabula nʼEkkanisa zʼAbamawanga zonna. Mutuuse okulamusa kwange eri abo bonna abakuŋŋaana ngʼekkanisa mu maka gaabwe. Mundabire mukwano gwange omwagalwa Epayineeto, kye kibala ekyʼolubereberye ekyʼomu Asiya eri Kristo.

Mulamusagane nʼokunywegera okutukuvu. Ekkanisa zonna eza Kristo, zibalamusizza.

tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso nʼeri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayitibwa abatukuvu, nʼabo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, owaabwe era owaffe;

Katonda mwesigwa, oyo eyabayita mu kussekimu okwʼOmwana we Yesu Kristo Mukama waffe. Kaakano mbeegayirira abooluganda, mu Iinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganyenga mwekka na mwekka muleme okwawukananga. Naye mube nʼomutima gumu nʼendowooza emu. Abooluganda, abʼewa Kuloowe bannyinnyonnyola nti Mu mmwe mulimu ennyombo. Kye ŋŋamba kye kino nti Buli omu ku mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, nze ndi wa Apolo, nze ndi wa Keefa, nze ndi wa Kristo. Kale Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku musaalaba ku lwammwe? Oba mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo?

naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru,

Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli.

Era okubuulira kwange nʼokuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu, okukkiriza kwammwe kuleme kuba kwʼamagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda. Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera ebyʼamagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde agʼabafuzi abʼomu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera ebyʼamagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda nʼedda olwʼekitiibwa kyaffe; tewali nʼomu ku bafuzi abʼomulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama owʼekitiibwa.

era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okwʼamagezi gʼabantu, naye mu bigambo Omwoyo byʼayigiriza, ebintu ebyʼOmwoyo nga bikwatagana nʼebyʼOmwoyo.

Nze nasiga, Apolo nʼafukirira, kyokka Katonda ye yakuza. Kale bwe kityo oyo asiga nʼoyo afukirira si be bakulu wabula Katonda akuza. Oyo asiga kaakano nʼoyo afukirira bali bumu, era buli omu aliweebwa empeera ye okusinziira ku mulimu gwʼaliba akoze. Kubanga ffe tuli bakozi abakolera awamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.

Okusinziira ku kisa kya Katonda ekya mpeebwa, ngʼomuzimbi owʼamagezi, nazimba omusingi, kaakano omulala aguzimbako. Naye buli aguzimbako yeegenderezenga bwʼaguzimbako. Kubanga tewali nʼomu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo.

Temumanyi nti Mmwe muli Yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.

Omuntu asaanidde atulabe ngʼabaweereza ba Kristo era abawanika bʼebyama bya Katonda. Ate era omuwanika kimugwanira okuba omuntu omwesigwa.

Naye kaakano mbawandiikira nga mbategeeza nti Mwewale omuntu yenna ayitibwa owooluganda ngʼate mwenzi, owoomululu, asinza bakatonda abalala, oba omuvumi, oba omutamiivu oba omukumpanya. Abʼengeri eyo nʼokulya temulyanga nabo. Kale nze nfaayo ki okusalira abʼebweru omusango? Lwaki sisalira abo abali mu mmwe? Naye abʼebweru Katonda ye abasalira. Omubi oyo ali mu mmwe mumuggyeemu.

Oba temumanyi ngʼomubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era nʼemibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe?

Temumanyi ngʼabo abakola mu Yeekaalu baliisibwa bya Yeekaalu, era nga nʼabo abaweereza ku kyoto bagabana bya ku kyoto? Mu ngeri yʼemu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olwʼEnjiri.

Kubanga bwe mbuulira Enjiri sisobola kwenyumiriza, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Era ziba zinsanze bwe sigibuulira.

Kale empeera yange yʼeruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olwʼomulimu ogwo nga bwe nsaanidde.

Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.

Ekikompe ekyʼomukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kussekimu okwʼomusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenya, si kwe kussekimu okwʼomubiri gwa Kristo? Kubanga ffe bangi, ffenna tulya ku mugaati gumu, ekiraga nga bwe tuli omubiri ogumu. Mulabe Isirayiri owʼomubiri, abalya ssaddaaka tebassa kimu na Kyoto? Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti Ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso? Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni musse kimu nabo. Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni.

Mundabireko nga nange bwe ndabira ku Kristo.

Mu bino bye ŋŋenda okubalagira temuli kya kubatenda, kubanga enkuŋŋaana zammwe zivaamu bibi okusinga ebirungi. Ekisooka bwe mukuŋŋaana ngʼekibiina, mwesalaasalamu ebitundu, era nzikiriza ngʼebimu ku ebyo bituufu. Naye okwesalaasalamu okwo kusaana kubeewo abatuufu balyoke bategeerekeke.

Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lwʼalijja. Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe. Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati nʼokunywa ku kikompe. Kubanga buli alya era anywa nga tafaayo kutegeera makulu ga mubiri gwa Mukama waffe, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga. Mu mmwe kyemuvudde mubaamu abanafu nʼabalwadde, era bangi bafudde.

Abooluganda, ssaagala mmwe obutategeera ebikwata ku birabo ebya Mwoyo.

Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba yʼomu. Waliwo engeri nnyingi ezʼokuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa yʼomu. Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola yʼomu. Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olwʼokugasa bonna. Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo ekyʼamagezi, omulala Omwoyo oyo omu nʼamuwa okuyiga nʼategeera. Omulala Omwoyo yʼomu nʼamuwa okukkiriza, nʼomulala nʼamuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde. Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, nʼomulala nʼamuwa okwogera ebyʼobunnabbi, ate omulala nʼamuwa okwawulanga emyoyo emirungi nʼemibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, nʼomulala nʼamuwa okuzivvuunula. Naye Omwoyo akola ebyo byonna yʼomu, yʼagabira buli muntu ngʼOmwoyo oyo bwʼayagala.

Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba nʼebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bwʼali bwʼatyo. Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.

Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi. Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu kyʼomubiri? Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa? Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi ebyʼenjawulo nʼalyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala. Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa? Naye kaakano ebitundu bingi naye ngʼomubiri guli gumu. Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba nʼomutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.” Era ebitundu ebyo ebyʼomubiri ebirabika ngʼebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo. Era nʼebitundu ebyo ebyʼomubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, nʼebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira, so ngʼebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bwʼatyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa nʼabyongera ekitiibwa, olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo. Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo.

Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, nʼabookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola ebyʼamagero, ne kuddako abalina ebirabo ebyʼokuwonya endwadde, nʼokuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era nʼaboogezi bʼennimi. Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? Bonna balina ekirabo kyʼokuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi?

Naye oyo ategeeza abantu ebyʼobunnabbi ayogera ebibazimba, ebibagumya era nʼokubazzaamu amaanyi. Ayogera ennimi yeezimba yekka, naye oyo ayogera ebyʼobunnabbi azimba ekibiina kyonna ekyʼabakkiriza. Nandyagadde mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala nandyagadde mwenna mwogere ebyʼobunnabbi, kubanga ayogera ebyʼobunnabbi akira oyo ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, Ekkanisa eryoke egasibwe.

Naye mu lukuŋŋaana njagala njogere nʼamagezi gange ebigambo bitaano abalala bye bategeera nga mbayigiriza, okusinga okwogera ebigambo omutwalo mu nnimi, bye bataategeere.

Noolwekyo ennimi kyeziva ziba akabonero, si eri abo abakkiriza naye eri abo abatali bakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kwʼabo abakkiriza so si abo abatali bakkiriza. Kale singa Ekkanisa ekuŋŋaana bonna ne boogera mu nnimi abatamanyi oba abatali bakkiriza ne bayingira, tebagamba nti Mulaluse? Naye singa bonna boogera ebyʼobunnabbi, atali mukkiriza oba atamanyi nʼayingira, ebyo ebyogerebwa byonna, bijja kumuleetera okulumirizibwa olwʼebibi bye, yeesalire omusango, ebyama byʼomu mutima gwe bibikkulwe, alyoke afukamire asinze Katonda, nga bwʼagamba nti, “Ddala Katonda ali mu mmwe.”

Kale abooluganda tugambe tutya? Bwe mukuŋŋaana buli omu aba ne zabbuli, oba ekyʼokuyigiriza, oba ekyo Katonda kyʼamubikkulidde, oba okwogera mu nnimi, oba okuvvuunula. Ebyo byonna bisaana bikolebwe olwʼokuzimba Ekkanisa ya Katonda. Singa wabaawo aboogera mu nnimi bandyogedde babiri, oba obutasussa basatu, era nga boogera mu mpalo, ate wabeewo nʼavvuunula. Naye bwe watabaawo avvuunula omwogezi wʼennimi asirike busirisi mu Kkanisa wabula ayogerere munda ye ne Katonda. Kyokka abo aboogera ebyʼobunnabbi boogerenga babiri oba basatu, ngʼabalala bafumiitiriza ku ebyo ebyogerwa. Naye singa omu ku batudde abikkulirwa ekigambo kya Katonda, oyo abadde ayogera asirikenga. Kubanga mwenna musobola okwogera ebyʼobunnabbi nga mwogera mu mpalo, bonna balyoke bayige era bongerwemu amaanyi. Abalina omwoyo ogwʼobunnabbi bafugibwa bannabbi, kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe. Kale nga bwe kiri mu Kkanisa zʼabatukuvu zonna,

abakazi basirikenga busirisi mu kuŋŋaaniro, kubanga tebakkirizibwa kwogera, wabula okukulemberwa ngʼamateeka bwe gagamba. Bwe wabangawo kye baagala okubuuza babuuzenga babbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogera mu Kkanisa. Kale mulowooza nti Ekigambo kya Katonda kyatandikira mu mmwe oba nti Mmwe be kyatuukako mwekka? Omuntu yenna alowooza okuba nnabbi oba omuntu owʼomwoyo, ategeere mu bujjuvu nti Bino bye mbawandiikira kye kiragiro kya Mukama. Naye omuntu yenna atabifaako naye si wa kufiibwako.

Kale baganda bange muyaayaanirenga okwogera ebyʼobunnabbi, kyokka okwogera mu nnimi temukuziyiza. Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu ntegeka entuufu.

Kubanga nze nsembayo mu batume, Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya Ekkanisa ya Katonda.

Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”

Era abooluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane mu nʼokunywegera okutukuvu.

Tetuli ngʼabangi abakozesa ekigambo kya Katonda olwʼokwenoonyeza ebyabwe, naye ffe twogera nga tetuliimu bukuusa. Naye twogera okuva eri Katonda era mu maaso ga Katonda, kubanga twogerera mu Kristo nga tetwekomoma.

Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda, oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza bʼendagaano empya etali ya nnukuta wabula eyʼomwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.

Twaleka ebikisibwa ebyʼensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza yʼomuntu mu maaso ga Katonda.

Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu.

Kubanga tumanyi ngʼennyumba yaffe eyʼensiisira eyʼoku nsi bwʼerisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, eyʼolubeerera eyʼomu ggulu.

Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda.

Ffe ngʼabakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere.

naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okwʼokubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa,

Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti, “Nnaabeeranga mu bo era natambuliranga mu bo, nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.” “Noolwekyo muve wakati mu bo, mubeeyawuleko, bwʼayogera Mukama. Temukwata ku bitali birongoofu, nange nnaabaaniriza.”

Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu.

Singa wabaawo ayagala okumanya ebifa ku Tito, tukolagana, mukozi munnange; abooluganda, bo batume ba kkanisa, olwʼekitiibwa kya Kristo. Noolwekyo okwagala kwammwe nʼokwenyumiriza kwammwe byeyoleke gye bali.

Naye nzija kweyongera okukola nga bwe nkola ndyoke nziggyewo omukisa eri abo abaagala okukozesa omukisa ogwo abaagala okulabika nga ffe mu kwenyumiriza kwabwe. Abantu ngʼabo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo.

Ekyʼamazima obubonero obwʼomutume bwakolerwa mu mmwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero ne mu byewuunyo, ne mu bikolwa ebyʼamaanyi.

Mulamusagane nʼokulamusa okutukuvu. Abatukuvu bonna babalamusizza. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nʼokwagala kwa Katonda, nʼokussekimu okwa Mwoyo Mutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.

Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bwʼabuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga. Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bwʼababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga. Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo.

Abooluganda omuntu bwʼabanga alina ekibi kyʼakoze, mmwe abʼomwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo. Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bwʼali, yeerimbarimba.

Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala abʼomu nnyumba eyʼokukkiriza.

Katonda atadde ebintu byonna wansi wʼebigere bye, nʼafuula Kristo omutwe gwʼebintu byonna ebyʼekkanisa, era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.

Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu nʼabatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda. Mwazimbibwa ku musingi ogwʼabatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu lyʼejjinja ekkulu eryʼoku nsonda. Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe. Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo kyʼazimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.

Mu biro ebyʼedda, tewali yali amanyi kyama ekyo okutuusa Omwoyo wa Katonda bwʼakibikkulidde abatume be abatukuvu ne bannabbi. Kino kye kyama kye njogerako: olwʼenjiri ya Kristo, Abaamawanga balisikira wamu ne Isirayiri ekyo Katonda kye yasuubiza, era baliba omubiri gumu, era ne bagabanira wamu ekisuubizo ekyo mu Kristo Yesu. Nafuuka omuweereza wʼenjiri eyo olwʼekirabo ekyʼekisa kya Katonda kye naweebwa, Katonda ngʼakolera mu maanyi ge. Newaakubadde nga nze nsembayo wansi mu batukuvu bonna, naweebwa ekisa ekyo, okubuulira Abaamawanga emikisa egiri mu Kristo egitageraageraganyizika. Katonda eyatonda ebintu byonna yayagala nnyambe buli muntu okutegeera ebyekyama ebyali bikwekeddwa mu Katonda. Katonda yakigenderera atyo, ngʼayita mu kkanisa, alyoke yeeyoleke eri amaanyi nʼobuyinza ebiri mu nsi eyʼomwoyo eya waggulu, ngʼabalaga nga bwʼalina amagezi amangi agʼebika ebyʼenjawulo.

agulumizibwenga mu Kkanisa ne mu Kristo Yesu, emirembe nʼemirembe. Amiina.

Ngʼomusibe wa Mukama waffe, mbakuutira mubeere nʼempisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa okutambuliramu. Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala. Munyiikirenga okukuuma obumu obwʼOmwoyo mu kwegatta awamu okwʼemirembe. Omubiri nga bwe guli ogumu, nʼOmwoyo omu, nʼessuubi liri limu eryʼokuyitibwa kwammwe. Mukama waffe ali omu, nʼokukkiriza kumu nʼokubatizibwa kumu. Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.

Era yʼomu oyo eyawa abamu okuba abatume, nʼabalala okuba bannabbi, nʼabalala okuba ababuulizi bʼenjiri, nʼabalala okuba abasumba, nʼabalala okuba abayigiriza. Ekyo yakikola olwʼokutendeka abantu ba Katonda olwʼomulimu ogwʼobuweereza, okuzimba omubiri gwa Kristo. Ekyo kijja kutwongera okugenda mu maaso, okutuusa ffenna lwe tulibeera nʼokukkiriza kumu, nʼokumanyira ddala Omwana wa Katonda nga tukulidde ddala mu mwoyo okutuuka ku kigera ekyʼokubeera nga Kristo bwʼali. Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ngʼabaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogwʼokuyigiriza okwʼabantu abakuusa, mu nkwe olwʼokugoberera enteekateeka eyʼobulimba. Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gwʼEkkanisa. Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ngʼekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala.

Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ezʼOmwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo. Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.

Omusajja gwe mutwe gwʼomukazi, nga Kristo bwʼali omutwe gwʼEkkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. Kale ngʼEkkanisa bwʼewulira Kristo, nʼabakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga babbaabwe mu byonna. Nammwe abasajja mwagalenga bakazi bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. Yaginaaza nʼamazzi, nʼagitukuza nʼekigambo kye, alyoke yeefunire Ekkanisa eyʼekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde.

Tewali nʼomu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bwʼajjanjaba Ekkanisa ye, kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. “Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti Kyogera ku Kristo nʼEkkanisa ye.

Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okwʼokwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okwʼengeri yonna, oba okusaasira, mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, nʼomwoyo gumu, nga mulowooza bumu, nga temukola kintu na kimu olwʼokuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka, nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ngʼafaayo ne ku byʼabalala.

Kale, abooluganda, mwegatte nʼabo abangoberera era mugobererenga abo abatambulira mu ebyo bye twabalaga.

Era ggwe mukozi munnange, nkusaba oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gwʼokubunyisa Enjiri. Abo awamu ne Kerementi, era ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo kyʼobulamu.

Ye gwe mutwe gwʼomubiri, nʼomubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna.

Kaakano nsanyuka olwʼokubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lwʼomubiri gwe, ye Kkanisa. Katonda yateekateeka okunfuula omuweereza wʼEkkanisa ye ku lwammwe, ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda mu bujjuvu.

Abʼengeri eyo baba tebakyali mu Kristo, omutwe gwʼomubiri gwonna. Omubiri ogwo gugattibwa mu nnyingo ne mu binywa era ne gugattibwa wamu nga gukula, Katonda nga yʼagukuza.

Ngʼabalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, nʼekisa, nʼobuwombeefu, nʼobuteefu, nʼobugumiikiriza. Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna. Nʼemirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga. Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye ebyʼomwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe.

naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda nʼatwesiga nʼEnjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ngʼabaagala okusanyusa abantu, wabula tusiimibwe Katonda, oyo akebera ebirowoozo byʼemitima gyaffe. Tetugezangako kubawangula na bigambo biwaaniriza nga nammwe bwe mumanyi, wadde okuba abʼomululu era Katonda akimanyi, newaakubadde okunoonyaamu ekitiibwa, newaakubadde okuva eri mmwe wadde abantu abalala, tulyoke tulabike ngʼabatume ba Kristo abʼamaanyi. Naye twefuula ngʼabaana abato mu maaso gammwe, nga nnyina wʼabaana bwe yandyagadde abaana be, bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo ne tusanyuka okubatuusaako si Enjiri ya Katonda yokka naye nʼokuwaayo emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwafuuka baagalwa baffe. Abooluganda mujjukire okufuba kwaffe nʼokutegana kwaffe; bwe twakolanga emisana nʼekiro tuleme okubazitoowerera, nga tubabuulira Enjiri ya Katonda.

Kaakano ku bikwata ku kwagalana kwʼabooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga.

Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola. Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira, mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olwʼomulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe. Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna.

ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olwʼokugumiikiriza kwammwe nʼokukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu nʼokubonaabona bye mugumiikiriza. Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera,

Abooluganda abaagalwa, mbakuutira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo ne mu buyinza bwe, mwewalenga abagayaavu abatayagala kukola mirimu ne balemwa okugoberera ekyokulabirako kye twabateerawo.

Era omuntu yenna bwʼatagonderanga biragiro byaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegereze, muleme kukolagananga naye, ensonyi ziryoke zimukwate. So temumuyisanga nga mulabe wammwe naye mumubuulirirenga ngʼowooluganda eyetaaga okulabulwa.

Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso. Beefuula bayigiriza bʼamateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa.

Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza wʼAbamawanga, mbategeeze ebyʼokukkiriza nʼebyʼamazima; njogera bituufu sirimba. Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.

Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu nʼamayinja agʼomuwendo, wadde okwambala engoye ezʼomuwendo ennyo. Wabula babe nʼebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa. Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga nga yeewombeese. Sikkiriza mukazi kuyigiriza wadde okuba nʼobuyinza ku musajja, wabula asaana asirikenga. Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Kaawa. Era Adamu si ye yasendebwasendebwa, wabula mukazi ye yasendebwasendebwa, nʼagwa mu kibi.

Ekigambo kyesigwa. Omuntu yenna bwʼayagalanga okuba Omulabirizi aba yeegombye omulimu omulungi. Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ngʼamanyi okuyigiriza. Tateekwa kuba mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula omuwombeefu, nga si muyombi era nga talulunkanira nsimbi. Ateekwa kuba ngʼafuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa. Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda? Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, si kulwa nga yeekuluntaza, nʼasalirwa omusango nga Setaani bwe yagusalirwa. Asaanira okuba ngʼassibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si ku lwa nga yeereetako ekivume.

Abadiikoni nabo kibagwanira okuba abantu abassibwamu ekitiibwa abatataaganaaga mu bigambo byabwe, abatatamiira, era abatalulunkanira bintu, nga bakuuma ekyama kyʼokukkiriza nʼomutima omulongoofu. Basookanga kugezesebwa balyoke baweereze mu budiikooni nga tebaliiko kya kunenyezebwa. Nʼabakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu. Omudiikoni ateekwa okuba nʼomukazi omu yekka, era ngʼasobola okufuga obulungi abaana be, nʼamaka ge. Kubanga abaweereza obulungi bafuna ekifo ekya waggulu era baba nʼobuvumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo.

kyokka bwe ndirwa omanye byʼosaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi nʼomusingi ebyʼamazima.

Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti Mu nnaku ezʼoluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, nʼenjigiriza ya baddayimooni,

Bwʼonootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ngʼoliisibwa nʼebigambo ebyʼokukkiriza, nʼenjigiriza ennungi gye wagoberera. Naye enfumo ezitaliimu, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiizenga okutya Katonda.

Lagiranga ebyo, era obiyigirizenga. Waleme kubaawo muntu nʼomu akunyooma olwʼobuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza. Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu nʼokubuuliriranga, nʼokuyigiriza okutuusa lwe ndijja. Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe. Ebyo biteeke mu nkola, era bissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi. Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu byʼoyigiriza era obinywerereko. Bwʼonookola bwʼotyo olyerokola ggwe wennyini, era nʼabo abakuwulira.

Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira nʼokuyigiriza ekigambo kya Katonda. Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ente ngʼewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa.” Era nti, “Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye.” Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu. Kyokka abo aboonoona banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye. Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde okugobereranga ebyo, nga teweekubira wadde okusaliriza. Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi byʼabalala; weekuumenga ngʼoli mulongoofu.

Omuntu yenna bwʼayigirizanga mu ngeri endala, nga takkiriziganya na bigambo ebya Mukama waffe Yesu Kristo ebireeta obulamu nʼokugobereranga enjigiriza eyʼokutya Katonda,

gye nalonderwa okugisaasaanya, nʼokuba omutume, era omuyigiriza, era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti Ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.

Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso gʼabajulirwa abangi biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala. Naawe bonaabonanga ngʼomuserikale omulungi owa Kristo Yesu.

Fubanga okweraga ngʼosiimibwa Katonda, ngʼoli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo eryʼobubaka obwʼamazima. Weewalenga ebigambo ebinyooma era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi mu butatya Katonda. Era ebigambo byabwe birisaasaana nga kookolo; mu abo mwe muli Kumenayo ne Fireeto, abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti Okuzuukira kwabaawo dda, era waliwo abamu be bakyamizza. Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era gulina akabonero kano: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama ave mu butali butuukirivu.”

Weewalenga empaka ezʼobusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu okulwana. Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, nʼokuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza, era aluŋŋamya nʼobwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima, ne bava mu mutego gwa Setaani gwe baguddemu abakozese byʼayagala, ne badda engulu mu kutegeera kwabwe.

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, omuntu wa Katonda alyoke abe ngʼatuukiridde, ngʼalina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu nʼabafu omusango, era nʼolwʼokujja kwe, nʼolwʼobwakabaka bwe, buuliranga ekigambo kya Katonda, ngʼoli mwetegefu mu kiseera ekituufu nʼekitali kituufu, ngʼolaga ebikwekeddwa, ngʼonenya, ngʼozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, nʼokubonaabona okungi, nʼokuyigiriza. Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olwʼokugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira. Baligaana okuwuliriza ebyʼamazima, ne bagoberera enfumo obufumo. Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ngʼokola omulimu ogwʼomubuulizi wʼenjiri, ngʼotuukiririza ddala obuweereza bwo.

Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereeza, era otekewo nʼabakadde bʼekkanisa mu buli kibuga, nga bwe nakulagira. Omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja alina omukazi omu, era nga nʼabaana baabwe bakkiriza, nga tebalina kibi kiyinza kuboogerwako era nga tebeenyigira mu bikolwa bya buseegu oba mu bujeemu. Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa ngʼomuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, nga si wa busungu, nga si mutamiivu, nga si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa naye ayaniriza abagenyi, ayagala okukola obulungi, omutegeevu, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ngʼamanyi okwefuga. Ateekwa okuba omuntu anywerera ku kigambo ekyesigwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, nʼokulaga obukyamu bwʼabo abagiwakanya.

Ebyo byʼobanga oyigiriza abantu. Buuliriranga era nenyanga nʼobuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga.

Agamba nti, “Nditegeeza baganda bange erinnya lyo, era nnaakuyimbiranga ennyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.” Era awalala agamba nti, “Nze nnaamwesiganga oyo.” Ate ne yeeyongera nʼagamba nti, “Laba nze nʼabaana Katonda be yampa.” Olwʼokubanga abaana balina omubiri nʼomusaayi, naye yalina omubiri nʼomusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi agʼokufa, ye Setaani.

Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba yʼoyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.

Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ngʼekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo nʼomu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bwʼekibi.

Newaakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kyetaaga okuddamu okubayigiriza, ebintu ebya bulijjo ebyʼamazima ebikwata ku kigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere enkalubo eyʼabakulu. Kubanga omuntu bwʼaba ngʼakyanywa mata, aba akyali mwana muto. Aba tannategeera kigambo kikwata ku byʼobutuukirivu. Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi nʼekibi.

kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga yʼafuga ennyumba ya Katonda,

era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ngʼabamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lwʼokudda kwa Mukama waffe lusembedde.

Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne mu kibuga kya Katonda omulamu, mu Yerusaalemi ekyʼomu ggulu nʼeri enkumi nʼenkumi ezʼabamalayika abakuŋŋaanye, nʼeri ekkanisa eyʼabo abaasooka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu ggulu, nʼeri Katonda Omulamuzi wa bonna, nʼeri emyoyo egyʼabantu abaatukirizibwa,

Mujjukirenga abakulembeze bammwe abaababuulira ekigambo kya Katonda, nga mutunuulira empisa zaabwe nga mugobereranga okukkiriza.

Muwulirenga abakulembeze bammwe era mubagonderenga, kubanga obuweereza bwabwe kwe kulabirira emyoyo gyammwe, balyoke bakikole nʼessanyu nga tebeemulugunya. Kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe. Mutusabirenga, kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo mulungi, era twagala okukolanga obulungi mu buli kimu.

Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ngʼayambadde engoye ezʼomuwendo omunene, ngʼanaanise nʼempeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo nʼomusajja omwavu ngʼali mu ngoye ezisensusesensuse, ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti Ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi wʼakatebe kwe nteeka ebigere byange,” kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi? Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi bʼeyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika abʼobwakabaka obwʼomu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala?

Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze bʼEkkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo nʼokukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba nʼomutima omumalirivu ogwʼomuntu omutuukirivu, kubeera nʼobuyinza bungi, era nʼebivaamu biba bya ttendo.

Mujje gyʼali nga muli ngʼamayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba eyʼomwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka eyʼomwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe. Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni, ejjinja eryʼoku nsonda eryʼomuwendo omungi eddonde, oyo eyeesiga Kristo, taliswazibwa.” Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza, naye eri abatakkiriza “Lye jjinja abazimbi lye batasaako mwoyo, lyʼeryo eryafuuka eryʼoku nsonda.” Era “Lye jjinja abantu lye beekoonako, lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe kyʼateekebwateekebwa. Naye mwe muli kika kironde, bakabona bwʼobwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza nʼabayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika. Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda, era mwali temusaasirwa, naye kaakano Katonda abasaasidde.

Nʼekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi. Musembezeganenga awatali kwemulugunya. Buli omu asaanidde okukozesa nʼobwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olwʼokugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gyʼagaba. Ayogera, ayogerenga ngʼatumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga nʼamaanyi gonna Katonda gʼamuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa nʼobuyinza emirembe nʼemirembe. Amiina.

Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ngʼatandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?

Noolwekyo mbulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe, omujulirwa wʼokubonaabona kwa Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulirwa. Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, mukiriisenga nga mukirabirira nʼokwagala so si na kwemulugunya, nga mukolerera amagoba agʼobukuusa wabula olwʼokujjumbira Katonda. Be mukulembera temubakambuwaliranga wabula mubakulemberenga nga mubalaga ekyokulabirako ekirungi. Era Omusumba Omukulu bwʼalikomawo, muliweebwa engule eyʼekitiibwa ekitaliggwaawo. Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka nʼobuwombeefu kubanga “Katonda akyawa abʼamalala naye abawombeefu abawa omukisa.”

Mulamusagane nʼokwagala okwʼEkikristaayo. Emirembe gibeerenga mu mmwe mwenna abali mu Kristo.

Naye waaliwo ne bannabbi abʼobulimba mu bantu, era nga bwe walibaawo abayigiriza abʼobulimba mu mmwe. Baliyingiza mu nkiso enjigiriza enkyamu etwala abantu mu kuzikirira. Balyegaana ne Mukama waffe, ne beereetako okuzikirira okwa mangu. Abantu bangi baligoberera empisa zaabwe ezʼobukaba ne bavumaganyisa ekkubo eryʼamazima; balibafunamu amagoba mangi nga bakozesa ebigambo ebyʼobulimba olwʼomululu gwabwe. Abo Katonda yabasalira dda omusango era nʼokuzikirizibwa kwabwe tekubuusibwabuusibwa.

Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu nʼOmwana we Yesu Kristo.

Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bwʼali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, nʼomusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna.

Oyo agamba nti Ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.

Abantu abo tebaali baffe ddala, era kyebaava batwawukanako, kubanga singa baali baffe ddala bandisigalidde ddala mu ffe. Naye baatuvaako kiryoke kitegeerekekere ddala nga bonna si bʼewaffe.

Mbawandiikidde bino olwʼokubanga waliwo abo ababalimbalimba. Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gyʼali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu yʼabayigiriza buli kimu, era wʼamazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.

Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda. Ku kino abaana ba Katonda nʼaba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda. Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga,

Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa.

Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olwʼabooluganda. Buli alina ebintu ebyʼomu nsi nʼalaba muganda we nga yeetaaga, naye nʼabulwako kyʼamuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye? Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.

Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi abʼobulimba bangi mu nsi.

Buli asukka ku ebyo Kristo byʼayigiriza nʼatabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe nʼOmwana. Omuntu yenna bwʼajja gye muli, nʼatayigiriza bwʼatyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, nʼokulamusa temumulamusanga. Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.

Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olwʼokwagala okwefuula omukulembeze tatwagala. Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu byʼakola, nʼebintu byʼatwogerako ebitali birungi, era nʼolulimi oluvuma lwʼakozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye nʼokulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa. Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula ebyʼobutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka byʼolaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti Abo abakola ebyʼobutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda.

Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya. Mbagaliza ekisa nʼemirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; nʼebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso gʼentebe ye eyʼobwakabaka,

Ka nkubuulire amakulu gʼemmunyeenye omusanvu zʼolabye mu mukono gwange ogwa ddyo, era nʼebikondo ebyʼettaala ebya zaabu omusanvu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika bʼEkkanisa omusanvu, ate ebikondo byʼettaala eza zaabu omusanvu ze Kkanisa omusanvu.”

“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Efeso wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu ngalo ze mu mukono gwe ogwa ddyo, oyo atambulira wakati wʼebikondo byʼettaala omusanvu ebya zaabu, nti Mmanyi ebikolwa byo nʼokugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ngʼogezesezza abo abeeyita abatume nʼobavumbula nga balimba. Era ogumiikirizza okubonaabona nʼoguma olwʼerinnya lyange, nʼotokoowa. Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda. Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bwʼotookole bwʼotyo ndijja gyʼoli ne nzigyawo ekikondo kyʼettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya. Wabula ekirungi ekikuliko kye kino: okyawa ebikolwa byʼAbanikolayiti nga nange bwe mbikyawa. Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogwʼobulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.”

“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Sumuna wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma nʼazuukira nʼaba mulamu, nti Mmanyi okubonaabona kwo nʼobwavu bwo, naye ngʼoli mugagga, era nʼokulimirira kwʼabo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. Temutya nʼakatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule eyʼobulamu. Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.”

“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼe Perugamo wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera oyo alina ekitala ekyogi ekyʼobwogi obubiri nti, Mmanyi gyʼobeera awo awali entebe yʼobwakabaka bwa Setaani, kyokka ngʼonywezezza erinnya lyange era wasigala nʼokukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gyʼabeera. Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo abʼenjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego nʼabaliisa ennyama eyʼomuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era nʼokwenda. Ate era olinayo nʼabakkiririza mu njigiriza yʼAbanikolayiti. Noolwekyo weenenye, bwʼotookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo nʼekitala ekyʼomu kamwa kange. Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”

“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Suwatira wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera Omwana wa Katonda, oyo alina amaaso agali ngʼennimi ezʼomuliro, nʼebigere ebimasamasa ngʼekikomo ekizigule nti, Mmanyi ebikolwa byo, nʼokwagala kwo, nʼokukkiriza kwo, nʼobutuukirivu bwo, nʼokugumiikiriza kwo, era nʼebikolwa byo ebyʼoluvannyuma bisinga ebyasooka. Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ngʼabayigiriza obwenzi nʼokulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala. Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe. Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era nʼabo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obwʼamaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti Nkebera emitima nʼebirowoozo era ndibasasula ngʼebikolwa byabwe bwe biri. Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani ebyʼobuziba ngʼenjogera bwʼegamba, sigenda kubassaako mugugu mulala. Wabula munyweze nnyo kye mulina okutuusa lwe ndijja. Oyo aliwangula era nʼoyo alisigala ngʼakola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga. ‘Alibafuga nʼomuggo ogwʼekyuma, nʼabayasaayasa ngʼayasaayasa ebibya ebyʼebbumba.’ Era ndimuwa emmunyeenye eyʼenkya nga nange bwe nagiweebwa Kitange. Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”

“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Saadi wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda nʼemmunyeenye omusanvu nti, Mmanyi ebikolwa byo, ngʼolina erinnya eriraga nti oli mulamu so nga oli mufu. Kale weegendereze onyweze ebikyasigaddewo ebitannafa. Kubanga mu byʼokola sinnalabamu byʼotuukiriza mu maaso ga Katonda wange. Kale jjukira bye wayigirizibwa ne bye wawulira obikwate era weenenye. Bwʼotegendereze ndijja mangu ngʼomubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gyʼoli. Naye waliwo abamu mu Saadi abatonotono abatayonoonanga byambalo byabwe, balitambula nange nga bambadde engoye enjeru, kubanga basaanidde. Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo kyʼobulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti Oyo muntu wange. Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”

“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Firaderufiya wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera oyo Omutukuvu era owʼamazima era alina ekisumuluzo kya Dawudi aggulawo ne wataba aggalawo, nʼokuggalawo ne wataba aggulawo. Mmanyi ebikolwa byo. Laba nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lwʼatayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, okuumye ekigambo kyange nʼoteegaana linnya lyange, laba nnyinza okuwaayo abamu ku abo abʼomu kuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya; laba ndibaleeta okusinziza ku bigere byammwe bategeere nti Mbaagala. Olwokubanga wakwata ekigambo kyange ekyʼokugumiikiriza, nange ndikuwonya ekiseera ekyʼokugezesebwa ekinaatera okujja. Nzija mangu! Nnyweza kyʼolina waleme kubaawo akutwalako ngule yo. Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, mwʼataliva emirembe gyonna, era ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, nʼerinnya lyʼekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva mu ggulu eri Katonda wange nʼerinnya lyange eriggya. Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”

“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Lawodikiya wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera oyo Amiina, omujulirwa, omwesigwa, owʼamazima, omukulu wʼabaliwo, nʼabalibaawo emirembe gyonna, era ensibuko yʼebitonde bya Katonda. Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ngʼoyokya oba ngʼonnyogoga. Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange. Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso nʼotomanya ngʼoli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe wʼamaaso era ali obwereere. Nkuwa amagezi onguleko ebya zaabu, eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale. Era onguleko ebyambalo ebyeru, obyambale, owone ensonyi ezʼokuyita obwereere; onguleko nʼomuzigo osiige ku maaso go, osobole okulaba. Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya. Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange nʼaggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi. Buli awangula ndimukkiriza okutuula ngʼanninaanye, ku ntebe yange eyʼobwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye. Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”

Kyebavudde babeera wano mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka eya Katonda nga bamusinza emisana nʼekiro mu Yeekaalu ye. Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, anaaberanga nabo ngʼabalabirira.

Ne mpeebwa olumuli oluli ngʼomuggo okupima ne ŋŋambibwa nti, “Golokoka opime Yeekaalu ya Katonda nʼekyoto nʼabo abasinziza mu Yeekaalu.

Awo Yeekaalu ya Katonda eyʼomu ggulu nʼeggulwawo, nʼessanduuko eyʼendagaano nʼerabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa nʼokubwatuka kwʼeggulu nʼomuzira omungi ogwʼamaanyi era ensi yonna nʼekankanyizibwa musisi owʼamaanyi ennyo.

Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa.”

Awo Yeekaalu nʼejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda nʼemu maanyi ge, so tewaali muntu nʼomu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.

Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo muleme kwegatta mu bibi bye, muleme kubonerezebwa wamu naye.

Kyokka ggwe eggulu ssanyuka olwʼokubonerezebwa kwe, nammwe abatukuvu ne bannabbi nʼabatume musanyuke. Kubanga Katonda amusalidde omusango ku lwammwe.’ ”

Awo eddoboozi ne liva mu ntebe eyʼobwakabaka nga ligamba nti: “Mumutendereze Katonda waffe, mmwe abaddu be mwenna abamutya abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa.” Ate ne mpulira oluyoogaano lwʼabantu abangi olwawulikika ngʼamayengo agʼennyanja ennene, oba ngʼeddoboozi eryʼokubwatuka, ne boogera nti, “Aleruuya, kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna yʼafuga. Ka tusanyuke, tujaguze, era tumugulumize, kubanga ekiseera kituuse ekyʼembaga eyʼobugole eyʼOmwana gwʼEndiga, era nʼomugole we yeeteeseteese. Omugole nʼayambazibwa olugoye olwa linena omulungi ennyo, olunekaaneka era olusingayo okutukula.” (Linena omulungi ennyo bye bikolwa ebyʼobutuukirivu ebyʼabatukuvu.) Malayika nʼaŋŋamba nti, “Wandiika nti Balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo kyʼembaga eyʼobugole eyʼOmwana gwʼEndiga.” Nʼayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.”

Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ngʼomugole bwʼabeera ku mbaga eyʼobugole bwe, ngʼayonjereddwa bbaawe. Ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka nga lyogera okuva mu ntebe eyʼobwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”

Awo omu ku bamalayika omusanvu abaali bamaze okuyiwa ebibya ebyalimu ebibonoobono omusanvu ebyʼenkomerero nʼajja nʼaŋŋamba nti, “Jjangu nkulage omugole wʼOmwana gwʼEndiga.” Nʼantwala ku ntikko yʼolusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; nʼandaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kyonna kijjudde ekitiibwa kya Katonda era nga kimasamasa ngʼejjinja eryʼomuwendo omungi, erya yasepi, eritangalijja. Bbugwe waakyo yali mugazi era nga mugulumivu, ngʼaliko emiryango kkumi nʼebiri era nga gikuumibwa bamalayika kkumi na babiri, nʼamannya gʼebika ekkumi nʼebibiri ebya Isirayiri nga gawandiikibbwa ku miryango egyo. Ku luuyi olwʼebuvanjuba kwaliko emiryango esatu, ne ku luuyi olwʼobukiikakkono nga kuliko emiryango esatu, ne ku luuyi olwʼobukiikaddyo nga kuliko emiryango esatu, era ne ku luuyi olwʼobugwanjuba nga kuliko emiryango esatu. Bbugwe yaliko amayinja agʼomusingi kkumi nʼabiri agʼabatume bʼOmwana gwʼEndiga.

Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu nʼOmwana gwʼEndiga, bo ye yeekaalu yaakyo.

“Nze Yesu, owʼomu kikolo era owʼomu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka eyʼEnkya.”

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net