08 – Yesu

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Yesu.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika nʼebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba abʼobuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa.

Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga yʼalirokola abantu bonna mu bibi byabwe.” Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ngʼayita mu nnabbi we ngʼagamba nti, “Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa ‘Emmanweri,’ amakulu gaalyo nti, ‘Katonda ali naffe.’ ”

Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi nʼenkumi, nʼenkuyanja nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka awamu nʼebiramu biri nʼabakadde bali. Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omwana gwʼEndiga eyattibwa, asaanidde okuweebwa obuyinza, nʼobugagga, nʼamagezi nʼamaanyi, nʼekitiibwa, nʼettendo nʼokwebazibwa!” Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi wʼensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, nʼettendo, nʼekitiibwa, nʼamaanyi byʼOyo atudde ku ntebe yʼobwakabaka awamu nʼOmwana gwʼEndiga, emirembe nʼemirembe.” Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” Nʼabakadde ne bavuunama ne bamusinza.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 391 ebitundu

Nteeka obulabe wakati wo nʼomukazi, ne wakati wʼezzadde lyo nʼezzadde lyʼomukazi; ezzadde lye linaakubetentanga omutwe, naawe onoolibojjanga ekisinziiro.

Isaaka nʼagamba Ibulayimu nti, “Taata.” Ibulayimu nʼamuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.” Isaaka nʼamubuuza nti, “Laba, omuliro nʼenku biibino, naye omwana gwʼendiga ogwʼekiweebwayo ekyokebwa guluwa?” Ibulayimu nʼamuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gwʼendiga ogwʼekiweebwayo ekyokebwa.” Kale ne bagenda bombi.

Katonda nʼagamba Musa nti, “NDI NGA BWE NDI,” nʼayongera nti, “Bwʼotyo bwʼonootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘NDI yʼantumye gye muli.’”

“Omuntu yenna bwʼanaayonoonanga nʼakola ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ne bwʼanaabanga takitegedde, anazzanga omusango. Anaaleeteranga kabona endiga ennume eteriiko kamogo ngʼagiggya mu kisibo kye, ngʼebalirirwamu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olwʼomusango. Kabona anaamutangiririranga olwʼekisobyo kyʼanaabanga akoze nga tagenderedde, era anaasonyiyibwanga.

Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu, era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde? Lwaki ogaana okunnyamba wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?

Ngiyiddwa ngʼamazzi, nʼamagumba gange gasowose mu nnyingo zaago. Omutima gwange guli ngʼobubaane, era gusaanuukidde mu mubiri gwange. Amaanyi gampweddemu, gakaze ngʼoluggyo; nʼolulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange. Ondese awo mu nfuufu ngʼomufu. Abantu ababi banneetoolodde; banneebunguludde ngʼembwa ennyingi; banfumise ne bawummula ebibatu byange nʼebigere byange. Amagumba gansowose nnyinza nʼokugabala. Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola. Bagabana engoye zange; era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.

Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo; ondokole, Ayi Mukama, Katonda owʼamazima.

Amagumba ge gonna Mukama agakuuma, ne watabaawo na limu limenyeka.

Era ne mukwano gwange gwe neesiganga bwe twalyanga, anneefuukidde.

Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna, nʼokwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ngʼenjuba. Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lwʼerinnya lye, era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.

Ndimufuula omwana wange omubereberye, era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna abʼensi.

Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ekkulu eryʼoku nsonda.

Ani eyali alinnye mu ggulu nʼakka? Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu kyʼengalo ze? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyatonda enkomerero zonna ezʼensi? Erinnya lye yʼani, ne mutabani we yʼani? Mbulira obanga obimanyi.

Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe empanvu ngʼagulumizibbwa, nʼekirenge kyʼekyambalo kye nga kijjula yeekaalu. Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ngʼalina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, nʼebibiri ngʼabibuusa. Buli omu yali ngʼayogera ne munne nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”

Noolwekyo Mukama Katonda yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri. Bwʼalituuka okwawula ekirungi nʼekibi aliba alya muzigo na mubisi gwa njuki. Kubanga ngʼomwana bwʼaba nga tannamanya kugaana kibi nʼalondawo ekirungi, ensi ezʼabakabaka ababiri bootya erisigala matongo.

Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye ekitangaala ekyʼamaanyi, abo abaatuulanga mu nsi eyʼekizikiza ekingi, omusana gubaakidde.

Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, nʼokufuga kunaabanga ku bibegabega bye. Nʼerinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi wʼamagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe owʼEmirembe Gyonna, Omulangira wʼEmirembe. Okufuga kwe nʼemirembe biryeyongeranga obutakoma. Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe, nʼokubuwanirira nʼobwenkanya nʼobutuukirivu okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Obumalirivu bwa Mukama Katonda owʼEggye bulikituukiriza ekyo.

Ensibuka erimera ngʼeva ku kikonge kya Yese, ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala. Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye, Mwoyo owʼamagezi nʼokutegeera ne Mwoyo wʼokusala ensonga, nʼowʼamaanyi ne Mwoyo wʼokumanya era nʼokutya Mukama Katonda.

Tewalibeera kukolaganako bulabe wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu. Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda, ngʼamazzi bwe gajjuza ennyanja. Awo ku lunaku luli, Omulandira gwa Yese guliyimiririra ngʼebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, nʼekifo kye ekyʼokuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa.

Olwo amaaso gʼabazibe galiraba, era nʼamatu gʼabakiggala galigguka; Omulema alibuuka ngʼennangaazi, nʼolulimi lwʼabatayogera luliyimba nʼessanyu. Amazzi galifubutuka ne gakulukutira mu lukoola nʼemigga mu ddungu.

Laba omuweereza wange gwe mpanirira, omulonde wange gwe nsanyukira ennyo. Ndimuwa Omwoyo wange era alireeta obwenkanya eri amawanga.

Bwʼati bwʼayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we, Mukama Katonda owʼEggye: “Nze wʼolubereberye era nze nkomererayo era tewali Katonda mulala we ndi.

Nʼawaayo omugongo gwange eri abankuba, nʼamatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu. Saakweka maaso gange eri abo abansekerera nʼeri abo abanfujjira amalusu.

Laba, omuweereza wange byʼakola alibikozesa magezi, aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa. Ngʼabaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi, endabika ye ngʼeyonoonese nnyo nga takyafaananika, era ngʼeyonoonese evudde ku yʼabantu, bwʼatyo bwʼanawuniikiriza amawanga mangi; bakabaka balibunira ku lulwe; kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba, era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera.

Ani akkiriza ebigambo byaffe, era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama? Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ngʼekisimbe ekigonvu era ngʼomulandira oguva mu ttaka ekkalu. Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gyʼali; tewaali kalungi mu ye katumwegombesa. Yanyoomebwa nʼagaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku nʼobuyinike. Tetwayagala na kumutunulako, ngʼomuntu gwe wandikubye amabega ngʼayitawo, bwe twamunyooma ne tutamuyitamu kabuntu. Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, nʼatwala ennaku yaffe, obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga. Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe kyali kibonerezo okuva eri Katonda. Naye yafumitibwa olwʼokusobya kwaffe. Yabetentebwa olwʼobutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera nʼemirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya. Ffenna twawaba ngʼendiga; buli omu ku ffe nʼakwata ekkubo lye; Mukama nʼamuteekako obutali butuukirivu bwaffe ffenna. Yanyigirizibwa era nʼobonyaabonyezebwa naye talina kye yanyega, yali ngʼomwana gwʼendiga ogutwalibwa okuttibwa, era ngʼendiga bwesirika obusirisi mu maaso gʼabo abagisalako ebyoya bwesirika, bwʼatyo bwe yasirika. Mu kunyigirizibwa nʼokusalirwa omusango yatwalibwa. Ani amanyi ku bye zadde lye? Yaggyibwa mu nsi yʼabalamu, ngʼakubiddwa olwʼokusobya kwʼabantu, bange. Ne bamussa mu ntaana nʼabakozi bʼebibi, nʼaziikibwa nʼabagagga mu kufa kwe, newaakubadde nga teyazza musango wadde akamwa ke okwogera ebyʼobulimba. Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta, era nʼokumuleetera okubonaabona. Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olwʼekibi, aliraba ezzadde, era obulamu bwe bulyongerwako, nʼebyo Mukama byʼasiima biriraba omukisa mu mukono gwe. Oluvannyuma lwʼokubonaabona kwʼobulamu bwe, bwʼaliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera. Era olwʼebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu; era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe. Kyendiva mmuwa ekifo ekyʼekitiibwa mu bangi, era aligabira bangi omunyago kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa, nʼabalirwa wamu nʼabakozi bʼebibi. Era yeetikka ebibi byʼabangi era ne yeegayiririra abakozi bʼebibi.

Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu nʼabali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, nʼabasibe bateebwe bave mu makomera. Okulangirira omwaka gwa Mukama ogwʼokulabiramu obulungi bwe; olunaku lwa Mukama olwʼokuwalanirako eggwanga era nʼokuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga. Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga, okubawa engule eyʼobubalagavu mu kifo kyʼevvu, nʼamafuta agʼessanyu mu kifo kyʼennaku. Ekyambalo kyʼokutendereza mu kifo kyʼomwoyo wʼokukeŋŋeentererwa balyoke bayitibwe mivule gyʼabutuukirivu, ebisimbe bya Mukama, balyoke baweebwe ekitiibwa.

“Ennaku zijja, lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu, Kabaka alikulembera nʼamagezi akole ebituufu ebyʼobwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.

Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja, lwe ndikola endagaano empya nʼennyumba ya Isirayiri era nʼennyumba ya Yuda. Teribeera ngʼendagaano eri gye nakola ne bajjajjaabwe bwe nabakwata ku mukono okubakulembera okubaggya mu nsi yʼe Misiri, kubanga baamenya endagaano yange nabo wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,” bwʼayogera Mukama. “Eno yʼendagaano gye nnaakola nʼennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bwʼayogera Mukama. “Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe, ne ngawandiika ku mitima gyabwe. Ndibeera Katonda waabwe, nabo balibeera bantu bange. Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we, oba omusajja muganda we ngʼagamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga bonna balimmanya, okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,” bwʼayogera Mukama. “Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, nʼekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”

“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda wʼeggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna.

Awo Kabaka Nebukadduneeza, mu kwewuunya nʼagolokoka mangu nʼabuuza abakungu be nti, “Mu muliro tetwasuddemu abasajja basatu nga basibiddwa?” Ne bamuddamu nti, “Bwe kyabadde, ayi kabaka.” Nʼayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so nʼowookuna ngʼafaanana ngʼomwana wa bakatonda.”

“Era nga nkyali awo ne ndaba, entebe ezʼobwakabaka nga ziteekeddwawo, nʼOwedda nʼEdda nʼatuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka. Ebyambalo bye byali byeru ngʼomuzira, nʼenviiri ezʼoku mutwe gwe nga njeru ngʼebyoya byʼendiga. Entebe ye eyʼobwakabaka yali eyakaayakana ngʼennimi zʼomuliro, ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro. Omugga gwʼomuliro nga gukulukuta, nga gukulukutira awo mu maaso ge. Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga, nʼemitwalo nʼemitwalo baayimiriranga mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kutandika, ebitabo ne bibikkulwa.

“Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ngʼomwana wʼomuntu, ngʼajja nʼebire ebyʼomu ggulu. Nʼajja okumpi nʼOwedda nʼEdda, nʼasembezebwa mu maaso ge. Nʼaweebwa obuyinza, nʼekitiibwa, nʼobwakabaka nʼamaanyi agava waggulu; abantu bonna, nʼamawanga gonna, nʼabantu abʼennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, nʼobwakabaka bwe tebulizikirizibwa.

“Manya era tegeera ngʼokuva ne kaakano ekiragiro nga bwe kiweereddwa ku kuzzibwawo kwa Yerusaalemi nʼokutuusa ku kujja okwʼomufuzi oyo eyafukibwako amafuta, waliba ebbanga lya wiiki musanvu. Nʼoluvannyuma kirizimbibwa mu wiiki nkaaga mu bbiri ne kiteekebwamu enguudo nʼolusalosalo, newaakubadde nga biriba biro bya kutegana. Nʼoluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu abʼomufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga nʼawatukuvu, nʼenkomerero ye erijja ngʼamataba, nʼentalo era nʼokuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero.

“Naye ggwe Besirekemu Efulasa, newaakubadde ngʼoli mutono mu bika bya Yuda, mu ggwe mwe muliva alibeera omufuzi wange mu Isirayiri. Oyo yaliwo okuva edda nʼedda, ngʼensi tennabaawo.”

Aliyimirira nʼanyweera nʼaliisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu kitiibwa kyʼerinnya lya Mukama Katonda we. Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu okutuusa ku nkomerero yʼensi.

‘Ekitiibwa ekyʼennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa kyʼeri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.”

Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni: leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gyʼoli; mutuukirivu era muwanguzi; muwombeefu era yeebagadde endogoyi, endogoyi ento, omwana gwʼendogoyi.

Awo Mukama nʼaŋŋamba nti, “Zisuulire omubumbi,” omuwendo guno ogwʼekitalo gwe bansasula! Kale ne ntwala ensimbi amakumi asatu eza ffeeza ne nzisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.

“Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi era ku batuuze ba Yerusaalemi Omwoyo owʼekisa nʼokwegayirira. Balintunuulira nze gwe baafumita: era balimukungubagira ngʼomuntu bwʼakungubagira omwana we omu yekka, era balimulumirwa nnyo omwoyo ngʼomuntu bwʼalumirwa mutabani we omubereberye.

Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo byaki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu nʼabifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ” “Zuukuka, ggwe ekitala olwanyise omusumba wange, olwane nʼomusajja annyimirira ku lusegere,” bwʼayogera Mukama owʼEggye. “Kuba omusumba endiga zisaasaane nange ndiyimusa omukono gwange ku baana abato.

Luno lwe Lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu.

Yakobo nʼazaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.

Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi nʼena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi nʼena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi nʼena.

Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ngʼakyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa nʼalabika ngʼali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu.

Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga yʼalirokola abantu bonna mu bibi byabwe.” Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ngʼayita mu nnabbi we ngʼagamba nti, “Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa ‘Emmanweri,’ amakulu gaalyo nti, ‘Katonda ali naffe.’ ”

Naye Yusufu nʼatamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu nʼamutuuma erinnya YESU.

Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu ekyʼomu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti, “Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka wʼAbayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.” Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi. Nʼayita bakabona abakulu bonna nʼabawandiisi bʼamateeka nʼabeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. Ne bamuddamu nti, “Mu Besirekemu ekyʼomu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti, ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda, toli mutono mu balangira ba Yuda, kubanga omufuzi aliva mu ggwe, alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”

Bwe baayingira mu nnyumba ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, nʼobubaane nʼomugavu.

“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu nʼomuliro. Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”

Awo Yesu nʼava e Ggaliraaya nʼajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana. Naye Yokaana nʼayagala okugaana, nʼagamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gwʼojja gye ndi?” Yesu nʼamuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana nʼamukkiriza. Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka nʼalaba Omwoyo wa Katonda ngʼamukkako mu kifaananyi kyʼejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

Awo Yesu nʼatwalibwa Mwoyo Mutukuvu mu ddungu okukemebwa Setaani. Nʼamala ennaku amakumi ana ngʼasiiba, nga talya, emisana nʼekiro, oluvannyuma enjala nʼemuluma.

Okuva mu kiseera ekyo Yesu nʼatandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obwʼomu ggulu busembedde.”

Yesu nʼabuna wonna mu Ggaliraaya ngʼayigiriza mu makuŋŋaaniro gʼAbayudaaya ngʼabuulira Enjiri eyʼobwakabaka obwʼomu ggulu, era ngʼawonya buli ndwadde yonna nʼobuyongobevu bwonna mu bantu. Amawulire agʼebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, nʼabalina ebibabonyaabonya, nʼabʼensimbu nʼabo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye nʼabʼendwadde endala ezitali zimu, bonna nʼabawonya. Ebibiina binene ne bimugoberera, abantu nga bava mu Ggaliraaya ne mu Dekapoli, ne mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya yonna, nʼemitala wʼomugga Yoludaani.

“Temulowooza nti Najja okuggyawo amateeka ga Musa oba ebya bannabbi. Sajja okubiggyawo wabula okubituukiriza.

“Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, nʼomubiri gusinga ebyambalo.

“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obwʼomu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala.

Yesu nʼamuddamu nti, “Ebibe birina obunnya mwe bisula, nʼennyonyi ezʼomu bbanga zirina ebisu, naye Omwana wʼOmuntu talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”

Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, “Muntu ki ono, omuyaga nʼennyanja gwe biwulira?”

Yesu nʼamanya bye balowooza. Nʼabagamba nti, “Lwaki mubeera nʼebirowoozo ebibi mu mitima gyammwe?

Naye mutegeere nga Omwana wʼOmuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo nʼagamba akoozimbye nti, “Yimirira weetikke akatanda ko, weddireyo ewammwe!”

Yesu nʼagenda ngʼayita mu bibuga byonna ebyʼomu kitundu ekyo, ne mu byalo ngʼayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ngʼabuulira Enjiri eyʼobwakabaka. Era buli we yatuukanga nʼawonya abalwadde nʼabakoozimbye bonna.

Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri, ne bajja gyʼali nʼabawa obuyinza okugobanga baddayimooni, nʼokuwonyanga buli ndwadde nʼokukozimba ebya buli ngeri.

Mulikyayibwa abantu bonna olwʼerinnya lyange. Naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero alirokolebwa.

“Buli muntu alinjatulira mu maaso gʼabantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. Na buli muntu alinneegaanira mu maaso gʼabantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

“Temulowooza nti Najja okuleeta emirembe ku nsi! Sajja kuleeta mirembe wabula ekitala. Kubanga najja okwawukanya omwana owoobulenzi ne kitaawe, nʼomwana owoobuwala ne nnyina nʼokwawukanya muka mwana ne nnyazaala we.

“Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga Nze tansaanira, nʼoyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga Nze naye tansaanira. Nʼoyo ateetikkenga musaalaba gwe nʼangoberera tansaanira.

Omwana wʼOmuntu, bwe yajja ngʼalya era ngʼanywa, ne boogera nti, ‘Wa mululu, muntu munywi, era mukwano gwʼabasolooza bʼomusolo nʼaboonoonyi. Bʼabeeramu!’ So nga amagezi geeragira mu bikolwa.”

“Kitange yankwasa ebintu byonna era Kitange yekka yʼamanyi Omwana, nange Omwana Nze nzekka Nze mmanyi Kitange, nʼabo be mba njagadde okulaga Kitange nabo bamumanyi.”

“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, nʼemyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo. Kubanga ekikoligo kyange kyangu, nʼomugugu gwange teguzitowa.”

Kubanga Omwana wʼOmuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”

Era abamawanga baliba nʼessuubi mu linnya lye.”

Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe wʼamaaso era nga tayogera. Nʼamuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera nʼasobola okwogera nʼokulaba. Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, “Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?”

Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe nʼabagamba nti, “Obwakabaka bwe bwawukanamu, oba ekibuga wadde amaka, tebiyinza kuyimirira.

Naye bwe mba ngoba baddayimooni nʼamaanyi gʼOmwoyo wa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.

Kubanga Yona nga bwe yamala mu lubuto lwʼekyennyanja ekinene ennaku ssatu emisana nʼekiro, nʼOmwana wʼOmuntu bwʼatyo bwʼalimala mu ttaka ennaku ssatu emisana nʼekiro.

Kubanga buli akola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”

Omwana wʼOmuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, nʼabajeemu,

Nʼalagira ekibiina kituule wansi ku muddo, nʼaddira emigaati etaano nʼebyennyanja ebibiri, nʼatunula waggulu ne yeebaza, emigaati nʼagimenyaamenyamu nʼagiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina. Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri! Abantu bonna abaalya baali ngʼenkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana.

Awo ku ssaawa nga mwenda ezʼekiro, Yesu nʼajja gye bali ngʼatambula ku nnyanja. Naye abayigirizwa bwe baamulaba ngʼatambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.

Nʼabo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!”

Abantu bʼomu kitundu ekyo bwe baamutegeera ne batumya abalwadde bonna ne babamuleetera. Ne bamwegayirira waakiri bakomeko bukomi ku lukugiro lwʼekyambalo kye, era buli eyakomako nʼawonyezebwa.

Abantu bangi ne bajja gyʼali, ne bamuleetera, abakoozimbye, nʼabatayogera nʼabalala bangi ne babassa we yali nʼabawonya.

nʼaddira emigaati omusanvu nʼebyennyanja, bwe yamala okwebaza, nʼabimenyaamenyamu, nʼawa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina. Buli muntu nʼalya nʼakkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu. Abaalya baawera abasajja enkumi nnya nga totaddeeko bakazi na baana.

Simooni Peetero nʼaddamu nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”

Awo nʼakuutira abayigirizwa be baleme kubuulirako muntu nʼomu nti Ye Kristo.

Okuva mu kiseera ekyo Yesu nʼatandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze bʼAbayudaaya ne bakabona abakulu, nʼabannyonnyozi bʼamateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.

Kubanga Omwana wʼOmuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ngʼebikolwa bye bwe byali.

Nʼafuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ngʼenjuba nʼebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana.

Bwe yali akyayogera ebyo ekire ekimasamasa ne kiva waggulu ne kibabuutikira eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala ennyo, era gwe nsanyukira ennyo. Mumuwulirenga.”

Ne bakuŋŋaanira mu Ggaliraaya, Yesu nʼabagamba nti, “Omwana wʼOmuntu anaatera okuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gyʼabantu abalimutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Abayigirizwa be ne banakuwala nnyo.

“Mwekuume obutanyoomanga nʼomu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti Bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. Kubanga Omwana wʼOmuntu yajja okulokola ekyabula.

Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”

Yesu nʼamugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba nʼobugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

“Laba twambuka e Yerusaalemi, Omwana wʼOmuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka, bamusalire omusango ogwʼokufa. Era balimuwaayo mu baamawanga ne bamuduulira ne bamukuba, era balimukomerera ku musaalaba. Naye ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.”

Mube nga Omwana wʼOmuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, nʼokuwaayo obulamu bwe okununula abangi.”

Abantu bangi ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo nʼabalala ne batema amatabi gʼemiti ne bagaalira mu luguudo. Ebibiina ebyamukulembera, nʼebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi! “Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama. “Ozaana waggulu ennyo!”

Awo Yesu nʼayingira mu Yeekaalu nʼagobamu abasuubuzi bonna nʼavuunika emmeeza zʼabaali bawaanyisa ensimbi nʼentebe zʼabaali batunda amayiba. Nʼabagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku yʼabanyazi.’” Awo abazibe bʼamaaso nʼabalema ne bajja gyʼali mu Yeekaalu nʼabawonya. Naye bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka bwe baalaba ebyʼekitalo bye yakola, nʼabaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga.

Awo Yesu nʼababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti, ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lyafuulibwa ejjinja ekkulu eryʼoku nsonda. Kino kyava eri Mukama era kya kyewuunyo.’ “Kyenva mbagamba nti, Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako ne buweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo. Oyo alyesitala nʼagwa ku lwazi, alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”

Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu nʼababuuza nti, “Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?” Ne baddamu nti, “Mwana wa Dawudi.” Yesu kyeyava ababuuza nti, “Dawudi ngʼajjudde Omwoyo bwʼayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we,’ ngʼagamba nti, Mukama yagamba Mukama wange nti Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo ne mbassa wansi wʼebigere byo?” “Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?” Ne wataba nʼomu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo.

“Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olwʼerinnya lyange.

Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kwʼeraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, nʼokujja kwʼOmwana wʼOmuntu bwe kutyo.

“Oluvannyuma lwʼebyo akabonero kʼOmwana wʼomuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kwʼamawanga gonna agʼomu nsi, era baliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajja ku bire byʼeggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene.

Eggulu nʼensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”

“Omwana wʼOmuntu bwʼalijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe eyʼekitiibwa kye. Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ngʼomusumba bwʼayawulamu endiga nʼembuzi. Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo nʼembuzi ku gwa kkono. “Awo Kabaka nʼalyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kwʼensi.

Bwe baali balya, Yesu nʼaddira omugaati nʼagusabira omukisa, nʼagumenyaamenyamu nʼagabira abayigirizwa be, nʼagamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.” Bwʼatyo nʼasitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, nʼabawa ngʼagamba nti, “Munywe ku kino mwenna, kubanga guno gwe musaayi gwange ogwʼendagaano oguyiika ku lwʼabantu abangi, olwʼokusonyiyibwa ebibi. Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.”

Nʼabagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.”

Tomanyi nti Nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira? Naye singa nkola bwe ntyo, olwo Ebyawandiikibwa, ebyogera ku bino ebiriwo kaakano, binatuukirira bitya?”

Naye Yesu nʼasirika busirisi. Ate Kabona Asinga Obukulu, nʼamuddira ngʼamugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda,” Yesu nʼaddamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana wʼOmuntu ngʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼakomawo ku bire ebyʼeggulu.”

Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi, nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye yʼaluwa?”

Awo Yesu bwe yayimirira mu maaso ga gavana, Omuruumi, gavana nʼamubuuza nti, “Ggwe Kabaka wʼAbayudaaya?” Yesu nʼamuddamu nti, “Okyogedde.”

Awo Piraato nʼabuuza ekibiina ekyali kikuŋŋaanye nti, “Mwagala mbasumululire ani, Balaba oba Yesu, ayitibwa Kristo?”

Piraato nʼababuuza nti, “Kale Yesu, ayitibwa Kristo, mukole ntya?” buli omu nʼaddamu nti, “Akomererwe!”

Awo ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza ekyambalo ekimyufu, ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, “Mirembe, Kabaka wʼAbayudaaya!” Ne bamuwandira amalusu, ne bamusikako olumuli ne balumukubya ku mutwe. Ebyʼokumuduulira bwe byaggwa, ne bamwambulamu ekyambalo ekimyufu, ne bamwambaza ekyambalo kye ekya bulijjo, ne balyoka bamufulumya okumutwala okumukomerera.

Ne bawanika ekipande waggulu wʼomutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti, “ONO YE YESU, KABAKA WʼABAYUDAAYA.”

Bakabona abakulu nʼabawandiisi ne bamuduulira, nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bwʼali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza! Yeesiga Katonda, kale amuggye ku musaalaba obanga Katonda amwagala. Yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’”

Ku ssaawa nga mwenda Yesu nʼayogerera waggulu nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, “Eri, Eri lama sabakusaani,” ekitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”

Awo Yesu ne yeeyongera okwogerera waggulu nʼeddoboozi eddene, nʼawaayo omwoyo gwe. Era laba! Eggigi lyʼomu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi nʼekankana, nʼenjazi ne zaatika. Entaana ne zibikkuka era abantu ba Katonda bangi abaali bafudde ne bazuukira, era Yesu bwe yamala okuzuukira ne bava mu ntaana gye baali baziikiddwa ne bayingira mu kibuga ekitukuvu ne balabibwa abantu bangi. Omuserikale omukulu wʼekibinja kyʼabaserikale ekikumi, nʼabaserikale abaali bakuuma Yesu, bwe baalaba okukankana kwʼensi ngʼokwa musisi, nʼebirala ebyabaawo, ne batya nnyo. Ne bagamba nti, “Ddala ddala ono abadde Mwana wa Katonda.”

Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ngʼokwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu nʼayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gwʼentaana, nʼalituulako. Amaaso ge gaali gamasamasa ngʼokumyansa kwʼeraddu, nʼekyambalo kye nga kyeru ekitukula be tukutuku. Abakuumi bwe baamulaba, ne bakankana nga batidde nnyo ne bagwa wansi ne baba ngʼabafudde. Awo malayika nʼagamba abakazi nti, “Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa, wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa. Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era agenda Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”

Bwe baali bagenda, amangwago Yesu nʼayimirira mu maaso gaabwe! Nʼabalamusa nti, “Mirembe?” Ne bagwa wansi ne bavuunama mu maaso ge, ne bamukwata ku bigere ne bamusinza. Awo Yesu nʼabagamba nti, “Temutya, mugende mugambe abooluganda bagende mangu e Ggaliraaya, gye balindabira.”

Awo Yesu nʼasemberera abayigirizwa be nʼabategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo nʼokutuukira ddala ensi lwʼeriggwaawo.”

Entandikwa yʼEnjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.

Nze mbabatiza na mazzi, naye ye alibabatiza na Mwoyo Mutukuvu.”

Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu nʼava e Nazaaleesi mu Ggaliraaya nʼajja, Yokaana nʼamubatiza mu mugga Yoludaani. Awo Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, nʼalaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo ngʼali ngʼejjiba ngʼamukkako. Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa, ggwe, gwe nsanyukira ennyo.” Amangwago Mwoyo nʼamutwala mu ddungu. Nʼamalayo ennaku amakumi ana ngʼali nʼensolo ezʼomu nsiko, ngʼakemebwa Setaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza.

Awo ne bayingira mu Kaperunawumu. Amangwago nʼayingira mu kuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nʼabayigiriza. Ne beewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ngʼabannyonnyozi bʼamateeka bwe baakolanga. Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, nʼawowoggana, ngʼagamba nti “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.” Awo Yesu nʼaguboggolera ngʼagamba nti, “Sirika era muveeko.” Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako. Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So nʼemyoyo emibi agiragira ne gimugondera.” Amangwago amawulire agamukwatako ne gasaasaana wonna mu byalo ebyetoolodde Ggaliraaya.

Era Yesu nʼawonya abalwadde bangi abaalina endwadde ezʼenjawulo era nʼabaaliko baddayimooni bangi nʼababagobako, ne baddayimooni teyabaganya kwogera, kubanga baali bamumanyi.

Naye omusajja nʼatandika okwogera ku ebyo ebyamubaako, nʼokubibunyisa. Yesu nʼatasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, naye nʼabeeranga mu bifo ebyekusifu. Abantu ne bajjanga gyʼali okuva mu njuyi zonna.

Wonna wonna gye yagendanga, mu byalo, mu bibuga, mu butale ne ku nguudo ne baleeta abalwadde ne bamwegayirira waakiri bakwateko bukwasi ku lukugiro lwʼekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako ne bawona.

Kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero nʼaddamu nti, “Ggwe Kristo.”

Awo Yesu nʼatandika okubabuulira nti, “Kigwanidde Omwana wʼOmuntu okubonaabona ennyo, nʼokugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka, nʼokuttibwa, nʼoluvannyuma lwʼennaku ssatu okuzuukira.”

Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa ngʼabagamba nti, “Omwana wʼOmuntu, ajja kuliibwamu olukwe era ajja kuttibwa era nga wayise ennaku ssatu alizuukira.”

Awo bwe baali nga bali mu kkubo, nga bagenda e Yerusaalemi, Yesu ngʼakulembeddemu, abayigirizwa be ne bamuvaako emabega nga bamugoberera naye nga bajjudde okutya nʼokweraliikirira. Yesu nʼabazza wa bbali, nʼabannyonnyola byonna ebyali bijja okumutuukako nga batuuse mu Yerusaalemi. Nʼababuulira nti, “Bwe tunaatuuka eyo, Nze, Kristo, Omwana wʼOmuntu nzija kukwatibwa, ntwalibwe mu maaso ga bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka. Bajja kumpaayo mu Baruumi bansalire ekibonerezo ekyʼokufa. Bajja kunduulira bampandire nʼamalusu bankube embooko era banzite, naye nga wayiseewo ennaku ssatu ndizuukira.”

Nange kennyini, Kristo, sajja ku nsi kuweerezebwa, wabula Nze okuyamba abalala, era nʼokuwaayo obulamu bwange ngʼomutango okununula abangi.”

Bwe baatuuka mu Yerusaalemi nʼayingira mu Yeekaalu, nʼatandika okugobamu abaali batundiramu nʼabaali baguliramu, nʼavuunika emmeeza zʼabaali bawaanyisa ensimbi, nʼavuunika nʼentebe zʼabatunzi bʼamayiba. Era nʼataganya muntu kuyisa kintu kyonna. Nʼabayigiriza ngʼagamba nti, “Tekyawandiikabwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabiramu amawanga?’ Naye mmwe mugifudde mpuku yʼabanyazi.” Bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka bwe baakiwulira, ne batandika okusala amagezi balabe bwe bayinza okumuzikiriza. Baali bamutya engeri ekibiina kyonna bwe kyali kyewuunya okuyigiriza kwe.

Bwe waayitawo akabanga, Yesu yali ayigiriza mu Yeekaalu, nʼababuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi bʼamateeka bagamba nti Kristo Mwana wa Dawudi?

Mulikyayibwa abantu bonna, olwʼerinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero yʼalirokolebwa.”

“Olwo muliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajjira ku bire nʼamaanyi mangi nʼekitiibwa kinene,

Eggulu nʼensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe nʼemirembe.”

Awo bwe baali balya, Yesu nʼaddira omugaati, ne yeebaza, nʼagumenyaamenyamu, nʼagabira abayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange.” Ate nʼaddira ekikompe ne yeebaza nʼakibawa; bonna ne banywa. Nʼabagamba nti, “Guno musaayi gwange ogwʼendagaano, oguyiika ku lwʼabangi.

Yesu nʼatamuddamu kintu. Ate Kabona Asinga Obukulu nʼamubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana wʼoyo atenderezebwa?” Yesu nʼaddamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana wʼOmuntu ngʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ngʼakomawo mu bire ebyʼeggulu.”

Piraato nʼabuuza Yesu nti, “Ggwe Kabaka wʼAbayudaaya?” Yesu nʼamuddamu nti, “Oyogedde.”

Ne bamwambaza ekyambalo ekya ffulungu, ne bakola engule mu maggwa ne bagissa ku mutwe gwe. Ne balyoka bamulamusa nga bwe bagamba nti, “Mirembe! Kabaka wʼAbayudaaya!” Ne bamukuba omuggo ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, ne bamufukaamirira nga bwe bamuvuunamira. Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu ekyambalo ekya ffulungu ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera.

Ne batimba ekipande waggulu wʼomutwe gwa Yesu, okwawandiikibwa nti, “KABAKA WʼABAYUDAAYA.” Waaliwo abanyazi babiri abaakomererwa awamu naye, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, nʼomulala ku kkono. Bwe kityo Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti, “Yabalirwa wamu nʼabamenyi bʼamateeka.”

“Ggwe! Kristo, Kabaka wa Isirayiri! Kale kka ove ku musaalaba naffe tunaakukkiriza!” Nʼabanyazi ababiri abaakomererwa naye, nabo ne bamuvuma.

Awo Yesu nʼakoowoola nʼeddoboozi eddene nti, “Eroi, Eroi, lama, sabakusaani?” Amakulu nti, “Katonda wange, Katonda wange, Lwaki onjabulidde?”

Awo Yesu nʼakoowoola nʼeddoboozi ddene, nʼawaayo obulamu bwe. Eggigi eryʼomu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuviira ddala waggulu okutuuka wansi. Omuserikale Omuruumi eyakuliranga ekibinja kyʼabaserikale ekikumi eyali ayimiridde okwolekera omusaalaba gwa Yesu, bwe yalaba enfa gye yafaamu, nʼagamba nti, “Ddala ddala, omusajja ono abadde Mwana wa Katonda!”

Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ngʼayambadde engoye enjeru, ngʼatudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo! Naye nʼabagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa. Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ” Awo abakazi abo ne badduka emisinde mingi okuva ku ntaana, nga batidde nnyo, nga bwe bakankana, ne batabaako nʼomu gwe bategeeza olwʼokutya.

Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, nʼatwalibwa mu ggulu nʼatuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama nʼabeeranga nabo, nʼanywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ngʼabakozesanga ebyʼamagero.

Kubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu. Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana wʼOyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe eyʼobwakabaka eya jjajjaawe Dawudi. Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era nʼobwakabaka bwe tebulikoma.”

Awo Maliyamu nʼabuuza malayika nti, “Ekyo kiriba kitya? Kubanga simanyi musajja.” Malayika nʼamuddamu nti, “Mwoyo Mutukuvu alikukkako, nʼamaanyi gʼOyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, nʼomwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda.

Nʼazaala omwana we omubereberye omulenzi, nʼamubikka mu bugoye, nʼamuzazika mu lutiba ente mwe ziriira, kubanga tebaafuna kifo mu nnyumba yʼabagenyi.

Kubanga Omulokozi, ye Kristo Mukama waffe azaaliddwa leero mu kibuga kya Dawudi. Ku kino kwe munaamutegeerera: Mujja kulaba omwana omuwere, ngʼabikkiddwa mu ngoye, ngʼazazikiddwa mu lutiba lwʼente.” Amangwago eggye lya bamalayika abʼomu ggulu ne beegatta ne malayika oyo ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali Waggulu ennyo. Nʼemirembe gibe mu nsi eri abantu Katonda bʼasiima.”

Awo Simyoni nʼabasabira omukisa. Nʼalyoka nʼagamba Maliyamu nti, “Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa nʼabalala ne bayimusibwa. Era naawe ennaku eri ngʼekitala erikufumita omutima, nʼebirowoozo byʼomu mitima gyʼabantu birimanyibwa.”

Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu nʼabatizibwa. Yesu nʼasaba, eggulu ne libikkuka, Mwoyo Mutukuvu nʼamukkako mu kifaananyi ekyʼejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

Awo Yesu nʼakomawo mu Ggaliraaya ngʼajjudde amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu, nʼayogerwako mu bitundu byonna ebyetoolodde mu byalo. Nʼayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, era bonna ne bamutendereza.

Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, nʼabikkula omuzingo gwʼempapula nʼalaba awagamba nti, “Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, nʼabazibe bʼamaaso okuzibulwa amaaso balabe, nʼabanyigirizibwa okufuna eddembe, nʼokulangirira ekiseera kya Mukama ekyʼokulagiramu ekisa kye.” Nʼazingako omuzingo nʼaguddiza omuweereza, nʼatuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso. Nʼatandika okubategeeza nti, “Olwa leero, Ebyawandiikibwa bino bye muwulidde bituukiridde!”

Ne beewuunya nnyo okuyigiriza kwe. Kubanga yayogeranga nga nnannyini buyinza. Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko dayimooni nʼatandika okuwowoggana nti, “Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu owʼe Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.” Yesu nʼamuboggolera ngʼagamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni nʼasuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, nʼamuvaako nga tamulumizza. Buli muntu nʼatya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira nʼobuyinza nʼamaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.”

Abamu baaliko baddayimooni, Yesu nʼabalagira ne bava ku balwadde nga bwe baleekaana nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye kubanga baamumanya nga ye Kristo, nʼatabaganya kukyogerako.

Bwe yamala okuyigiriza nʼagamba Simooni nti, “Kale kaakano sembeza eryato lyo ebuziba, mu mazzi amangi, musuule obutimba bwammwe mu nnyanja, mujja kukwasa ebyennyanja bingi!” Simooni nʼaddamu nti, “Mukama waffe, twateganye dda ekiro kyonna, naye ne tutakwasa kantu. Naye ggwe nga bwʼotugambye, nzija kusuula obutimba.” Awo bwe baakola bwe batyo, obutimba bwabwe bwajjula ebyennyanja, ne butandika nʼokukutuka. Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato liri eddala bajje babayambe, ne bajja, amaato gombi ne gajjula ebyennyanja, ne gajula nʼokusaanawo. Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, nʼafukamira mu maaso ga Yesu nʼamugamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo.”

Nate Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, nʼababuuza nti, “Lwaki mulowooza bwe mutyo mu mutima gwammwe?

Mulina omukisa bwe babakyawa, ne babeewala, ne babavuma, ne basiiga erinnya lyammwe enziro, olwʼOmwana wʼOmuntu.”

Yesu kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero nʼaddamu nti, “Ggwe Kristo wa Katonda.” Awo Yesu nʼabakuutira, ngʼabalagira obutakitegeezaako muntu yenna, nʼabategeeza nti, “Kigwanidde, Omwana wʼOmuntu, okubonaabona ennyo, nʼokugaanibwa abakulembeze bʼAbayudaaya, ne bakabona abakulu, nʼabannyonnyozi bʼamateeka, nʼokuttibwa, naye ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa!”

Ebintu byonna Kitange yabinkwasa. Tewali amanyi Mwana wabula Kitange, era tewali amanyi Kitange wabula Omwana awamu naabo Omwana bʼalondamu okubamubikkulira.”

“Era mbategeeza nti Buli anjatula mu maaso gʼabantu, nʼOmwana wʼOmuntu, alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda. Naye oyo anneegaanira mu maaso gʼabantu, nʼOmwana wʼOmuntu alimwegaanira mu maaso ga bamalayika ba Katonda.

Awo Yesu nʼazza ku bbali ekkumi nʼababiri, nʼabagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana wʼOmuntu, bijja kutuukirizibwa. Ajja kuweebwayo mu mikono gyʼabannaggwanga okukudaalirwa nʼokuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”

Kubanga Omwana wʼOmuntu, yajjirira kunoonya nʼokulokola abaabula.”

Awo Yesu nʼayingira mu Yeekaalu nʼagobamu abaali batundiramu. Nʼabagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga ya kusinzizangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku yʼabanyazi.’” Okuva mu kiseera ekyo Yesu nʼayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka, nʼabakulembeze bʼAbayudaaya ne bagezaako okufuna akaagaanya we banaamuttira. Naye ne balemwa kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwuliriza.

Yesu nʼabatunuulira nʼabagamba nti, “Kale ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki? Ekigamba nti, ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuulibwa ekkulu eryʼoku nsonda.’ Omuntu yenna agwa ku jjinja eryo alimenyekamenyeka, gwe ligwira alibetentebwa.”

Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange.

Mu kiseera ekyo muliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajjira mu kire nʼobuyinza nʼekitiibwa kingi.

Eggulu nʼensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.

Ate nʼatoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, nʼagumenyaamenyamu, nʼabagabira ngʼagamba nti, “Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe muti nga munzijukira.” Bwe baamala okulya ekyekiro, nʼaddira nate ekikompe era mu ngeri yʼemu nʼakibakwasa ngʼagamba nti, “Ekikompe kino ke kabonero akʼendagaano ya Katonda empya ekakasibwa mu musaayi gwange oguyiyibwa ku lwammwe.

Naye mmwe mubadde wamu nange mu biseera bino ebyʼokugezesebwa kwange, era kubanga Kitange ampadde obwakabaka, noolwekyo mbaatulira kati nti mbawadde ekifo okutuula nʼokulya era nʼokunywera ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange obwo, era mulituula ku ntebe ne mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi nʼebibiri.

Yali mu kunyolwa kunene nnyo okwʼomwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo nʼatuuyana nʼentuuyo ezamuvaamu ne ziba ngʼamatondo gʼomusaayi, era ne gatonnya wansi.

Naye ekiseera kituuse, Nze, Omwana wʼOmuntu, okutuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna.” Bonna ne baleekaana nti, “Kwe kugamba nti Ggwe Mwana wa Katonda?” Yesu nʼabaddamu nti, “Nga bwe mugambye bwe ntyo bwe ndi.”

Piraato kwe kubuuza Yesu nti, “Ggwe kabaka wʼAbayudaaya?” Yesu nʼamuddamu nti, “Ggwe okyogedde.”

Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu nʼabamenyi bʼamateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo nʼomulala ku ludda olwa kkono. Yesu nʼagamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.

Waggulu wʼomutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti, “ONO YE KABAKA WʼABAYUDAAYA.”

Nʼalyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bwʼolijja mu bwakabaka bwo.” Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti Olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”

Awo obudde bwe bwatuuka essaawa omukaaga ezʼomu ttuntu, enzikiza nʼekwata ku nsi yonna, okutuusa ku ssaawa eyʼomwenda, kubanga enjuba yalekeraawo okwaka. Amangwago eggigi lyʼomu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri. Awo Yesu nʼayogerera waggulu nʼeddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba nti, “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, nʼafa.

Ne bayimirira awo nga babuliddwa ekyʼokukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe ngʼabambadde engoye ezimasamasa. Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana? Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti,

Nʼatandikira ku Musa nʼayitaayita mu bannabbi bonna ngʼagenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.

Nʼabagamba nti, “Nabategeeza nga nkyali nammwe nti Ebintu byonna ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bya bannabbi, ne mu Zabbuli, byali biteekwa okutuukirira.” Nʼalyoka asumulula emitima gyabwe, ne bategeera ebyawandiikibwa. Nʼabagamba nti, “Kyawandiikibwa dda nnyo nti Kristo kimugwanira okubonaabona, nʼokufa era ku lunaku olwokusatu azuukire mu bafu. Era mu linnya lye Enjiri eyʼokwenenya nʼokusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi.

Bwe yali ngʼakyabawa omukisa, nʼabavaako, nʼasitulibwa, nʼatwalibwa mu ggulu. Ne bamusinza, ne baddayo mu Yerusaalemi nga bajjudde essanyu lingi.

Kigambo yaliwo ngʼensi tennatondebwa. Kigambo yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda. Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda. Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo.

Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera. Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza. Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kwʼomubiri, wadde okwagala kwʼomuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda. Kigambo nʼafuuka omubiri, nʼabeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ngʼekyʼoyo omu yekka eyava eri kitaffe ngʼajjudde ekisa nʼamazima.

Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa nʼamazima.

Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza nʼalaba Yesu ngʼajja, nʼagamba nti, “Mulabe Omwana gwʼEndiga owa Katonda aggyawo ebibi byʼensi.

Yesu nʼayitawo ngʼatambula. Yokaana nʼamutunuulira enkaliriza nʼagamba nti, “Mulabe Omwana gwʼEndiga wa Katonda.”

Awo Andereya nʼagenda anoonya muganda we Simooni nʼamugamba nti, “Tulabye Masiya” (amakulu nti Kristo).

Nassanayiri nʼamuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”

Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olwʼomukolo gwʼAbayudaaya ogwʼokwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano. Yesu nʼagamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo. Awo nʼabagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu wʼabagabuzi.” Ne basena ne bamutwalira. Omukulu wʼabagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gyʼavudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, nʼayita omugole omusajja nʼamugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, nʼoluvannyuma ngʼabagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo nʼalyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gwʼosembezzaayo!”

Awo Yesu nʼaddira emiguwa nʼagifunyaafunya ne giba ngʼembooko nʼagobawo endiga nʼente, nʼasaasaanya nʼensimbi ezʼabaali bawaanyisa, nʼavuunika nʼemmeeza zaabwe. Nʼakyukira abaali batunda amayiba nʼabagamba nti, “Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale.” Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, “Obuggya bwʼEnnyumba yo, Ayi Mukama, bulindya.” Awo Abayudaaya ne bamubuuza nti, “Kabonero ki kʼotulaga nti olina obuyinza okukola bino?” Yesu kwe kuddamu nti, “Mumenyeewo Yeekaalu eno ngizzeewo mu nnaku ssatu.”

Naye obanga temukkiriza bwe mbabuulira ebyʼensi, kale munaasobola mutya okukkiriza bwe nnaababuulira ebyʼomu ggulu? Kubanga tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, okuggyako eyava mu ggulu, ye Mwana wʼOmuntu. Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo nʼOmwana wʼOmuntu kimugwanira okuwanikibwa, buli amukkiriza alyoke afune obulamu obutaggwaawo. “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya lyʼOmwana oyo omu yekka owa Katonda.

“Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Owʼomu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi.

Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe. Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”

Yesu nʼamuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma. Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”

Omukazi nʼamugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bwʼalijja, alitutegeeza ebintu byonna.” Yesu nʼamugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”

Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya mateeka ga Ssabbiiti kyokka, naye yeeyita Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanaankana ne Katonda. Awo Yesu nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana taliiko kyʼakola ku bubwe, wabula ekyo kyʼalaba Kitaawe ngʼakola. Kubanga ye byʼakola nʼOmwana byʼakola. Kubanga Kitaawe wʼOmwana ayagala Omwana we era amulaga kyʼakola, era Omwana ajja kukola ebyamagero bingi ebyewuunyisa okusinga na bino. Kubanga nga Kitaawe wʼOmwana bwʼazuukiza abafu, bwʼatyo nʼOmwana awa obulamu abo baayagala. Era Kitaawe wʼOmwana talina nʼomu gwʼasalira musango, naye obuyinza obwʼokusala emisango gyonna yabuwa Omwana we, abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa. “Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, nʼakkiriza eyantuma, aba nʼobulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ngʼatuuse mu bulamu.

Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi lyʼOmwana wa Katonda, era nʼabaliwulira baliba balamu. Kubanga nga Kitaawe wʼOmwana bwʼalina obulamu mu ye, bwʼatyo bwe yawa Omwana okuba nʼobulamu mu ye, era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana wʼOmuntu. “Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.

Yesu nʼabaddamu nti, “Nze mmere eyʼobulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta.

Kubanga ekyanzigya mu ggulu kwe kukola ekyo Katonda eyantuma kyʼayagala, so si Nze bye njagala ku bwange.

Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bwʼalya ku mmere eno aliba mulamu emirembe nʼemirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”

Yesu nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa nʼomusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe. Buli alya omubiri gwange nʼanywa nʼomusaayi gwange, ngʼafunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olwʼenkomerero. Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala nʼomusaayi gwange kye kyokunywa ddala. Oyo alya ku mubiri gwange era nʼanywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye.

Abayigirizwa ba Yesu bangi bwe baabiwulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu okutegeera. Ani asobola okutunnyonnyola kyʼagamba?” Awo Yesu bwe yategeera nga nʼabayigirizwa be bakyemulugunyako, nʼabagamba nti, “Ekyo kibeesittaza? Kale mulirowooza ki bwe muliraba Omwana wʼOmuntu ngʼaddayo gye yava? Mwoyo Mutukuvu yʼawa obulamu. Omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu.

Awo nʼagamba nti, “Kyennava ŋŋamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bwʼatakiweebwa Kitange.”

Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako ne bataddayo kuyita naye. Awo Yesu nʼakyukira abayigirizwa be ekkumi nʼababiri nʼababuuza nti, “Nammwe mwagala kugenda?” Simooni Peetero nʼamuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gwʼolina ebigambo byʼobulamu obutaggwaawo.

Awo Yesu kwe kubaddamu nti, “Nze sibayigiriza byange ku bwange, wabula ebyʼoyo eyantuma. Buli ayagala okukola Katonda byʼayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda. Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, naye oyo anoonya ekitiibwa kyʼoyo eyantuma wa mazima so nʼobutali butuukirivu tebuba mu ye. Musa teyabawa amateeka?

Awo Yesu nʼayongera okwogera nʼekibiina, nʼagamba nti, “Nze Musana gwʼensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga nʼomusana ogwʼobulamu.”

Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma.

Kale Nze nneyogerako era nʼoyo eyantuma ategeeza ebyange.”

Yesu nʼabagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi, naye Nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, Nze siri wa ku nsi kuno. Kyenvudde mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti Nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”

Awo Yesu nʼabagamba nti, “Bwe mulimala okuwanika Omwana wʼOmuntu ne mulyoka mutegeera nti Nze wuuyo, era siriiko kye nkola ku bwange, naye njogera ebyo Kitange bye yanjigiriza. Era oyo eyantuma ali nange, tandekanga bwʼomu, kubanga bulijjo nkola byʼayagala.”

Yesu nʼabaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.”

Yesu nʼategeera nga bamusindise ebweru. Bwe yamusanga nʼamugamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana wʼOmuntu?” Omusajja nʼamubuuza nti, “Ssebo, yʼaluwa mmukkirize?” Yesu nʼamugamba nti, “Omulabye, yewuuyo ayogera naawe.” Omusajja nʼagamba nti, “Mukama wange, nzikiriza!” Nʼamusinza.

Awo Yesu kyeyava ayongera nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gwʼendiga.

“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olwʼendiga.

“Nze ndi musumba mulungi, nʼendiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi. Nga Kitange bwʼammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olwʼendiga. Nnina nʼendiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba nʼomusumba omu. “Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. Tewali nʼomu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”

Yesu nʼaddamu nti, “Nababuulira dda naye temukkiriza. Ekikakasa ebyo gyʼemirimu gye nkola mu linnya lya Kitange. Naye mmwe temunzikiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera. Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali nʼomu ayinza kuzisikula mu mikono gyange, kubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange. Nze ne Kitange tuli omu.”

Nze ne Kitange tuli omu.” Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okumukuba. Yesu nʼabagamba nti, “Mwalaba ebyamagero bingi Kitange bye yankozesa, kiruwa ku ebyo kye musinziirako okunkuba amayinja?” Ne bamuddamu nti, “Tetukuvunaana lwa birungi byʼokola wabula lwa kubanga ovvoola; ggwe oli muntu buntu naye weeyita Katonda.”

naye obanga nkola byʼayagala, newaakubadde Nze temunzikiriza waakiri mukkirize ebyo bye nkola mulyoke mutegeere nti Kitange ali mu Nze, era nange ndi mu Kitange.”

Yesu nʼamugamba nti, “Nze kuzuukira nʼobulamu; akkiriza nze newaakubadde ngʼafudde, aliba mulamu, na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe nʼemirembe. Ekyo okikkiriza?” Maliza nʼamugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti Ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”

Yesu nʼakaaba amaziga.

Bwe yamala okwogera bwʼatyo, nʼakoowoola mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Laazaalo fuluma.” Awo Laazaalo nʼava mu ntaana, ngʼamagulu ge nʼemikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga nʼekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu nʼabagamba nti, “Mumusumulule atambule.”

Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali bazze ku mbaga eyʼOkuyitako bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemi, ne bakwata amatabi gʼenkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti, “Ozaana.” “Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.” “Ye Kabaka wa Isirayiri.”

Yesu nʼabaddamu nti, “Ekiseera kituuse Omwana wʼOmuntu agulumizibwe.

Kitange gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ndigulumizizza era ndyongera okuligulumiza.”

Bwe ndiwanikibwa okuva mu nsi, ndiwalulira bonna gye ndi.” Ekyo yakyogera ngʼategeeza enfa gye yali anaatera okufaamu.

Ebyo nnabbi Isaaya yabyogera kubanga yalaba ekitiibwa kye, era nʼamwogerako.

Kyokka buli agaana Nze era nʼagaana nʼebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olwʼenkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza. Kubanga Nze bye njogera si byange, ku bwange, naye mbategeezezza ebya Kitange bye yandagira okubategeeza.

Ku lunaku olukulembera Embaga eyʼOkuyitako, Yesu yamanya ngʼekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.

Yuda olwafuluma, Yesu nʼagamba nti, “Kaakano Omwana wʼOmuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye. Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.

Yesu nʼaddamu nti, “Nze kkubo, nʼamazima nʼobulamu. Tewali nʼomu ajja eri Kitange wabula ngʼayita mu Nze. Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”

Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ngʼayita mu Nze. Kale munzikirize nti Ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olwʼemirimu gyokka.

“Ddala ddala mbagamba nti Buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange. Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.” “Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange,

Ku lunaku olwo mulitegeera nga Nze ndi mu Kitange, era nga muli mu Nze, nga nange ndi mu mmwe.

Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma.

Mujjukire kye nʼabagamba nti ŋŋenda era ndikomawo gye muli. Singa ddala mubadde munjagala mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange yʼansinga ekitiibwa.

“Nze muzabbibu ogwʼamazima, ate Kitange ye mulimi.

“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola. Omuntu bwʼatabeera mu nze asuulibwa ebweru ngʼettabi erikaze. Amatabi ngʼago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya. Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.

“Mbaagadde nga Kitange bwʼanjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange. Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe. “Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire.

Kye mbalagira kye kino nti Mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala. Tewali kwagala kusinga okwʼomuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.

Ensi bwʼebakyawanga mumanye nti Yasooka kukyawa Nze.

Buli ankyawa aba akyawa ne Kitange.

Oyo agenda kungulumiza, kubanga agenda kubategeeza bye nnaamubuuliranga. Byonna Kitange byʼalina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo Mutukuvu anaabategeezanga bye nnaamubuuliranga.

Kaakano tutegedde ngʼomanyi byonna, era nga tewali kyetaagisa kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.”

Laba, ekiseera kijja, era kituuse mwenna lwe munaasaasaana buli omu nʼaddayo ku bibye, ne mundeka nzekka. Kyokka sijja kuba nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange. Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube nʼemirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi.”

Yesu bwe yamala okwogera ebyo nʼayimusa amaaso ge nʼatunula eri eggulu, nʼayogera nti, “Kitange ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, nʼomwana alyoke akugulumize, nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu owʼamazima, nʼoyo gwe watuma, Yesu Kristo. Nkugulumizizza ku nsi, omulimu gwe wantuma okukola, ngumalirizza. Kale kaakano, Kitange, ngulumiza wamu naawe mu kitiibwa ekyo kye nnali nakyo ngʼensi tennabeerawo.”

Mbasabira. Sisabira nsi, naye nsabira abo be wampa kubanga babo. Ngʼebintu byonna bwe biri ebyange ate era nga bibyo, era ne bibyo nga byange, bampeesa ekitiibwa.

“Nange kaakano nzija gyʼoli, era mbabuulidde ebintu bino nabo babe nʼessanyu lyange nga lituukiridde mu bo. Mbawadde ekigambo kyo, ensi nʼebakyawa kubanga si ba nsi nga Nze bwe siri wa nsi.

bonna babeere bumu, nga ggwe Kitange bwʼoli mu Nze, nange nga ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma. Mbawadde ekitiibwa kye wampa, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. Nze nga ndi mu bo, era naawe ngʼoli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti Obaagala nga bwʼonjagala.” “Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ngʼensi tennatondebwa.

Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu nʼabaddamu nti, “Ye Nze,” Yuda, eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi.

Yesu nʼaddamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa bubadde bwa mu nsi eno abaweereza bange bandirwanye ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” Piraato nʼamubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?” Yesu nʼamuddamu nti, “Okyogedde nti ndi kabaka. Ekyo kye nnazaalirwa era kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Era abo bonna abaagala amazima bawulira eddoboozi lyange.”

Abaserikale ne bakola engule eyʼamaggwa ne bagissa ku mutwe gwa Yesu, ne bamwambaza olugoye olwa kakobe, ne bajja wʼali ne bamugamba nti, “Mirembe, Kabaka wʼAbayudaaya!” Ne bamukuba empi.

Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo asaanidde kuttibwa, kubanga yeeyita Omwana wa Katonda.”

Lwali lunaku lwa kutegeka Mbaga ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ezʼomu ttuntu. Piraato nʼagamba Abayudaaya nti, “Kabaka wammwe wuuno!” Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Muggyeewo, muggyeewo, mukomerere!” Piraato nʼababuuza nti, “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera?” Bakabona ne baddamu nti, “Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaali.”

Piraato nʼakola ekiwandiiko nʼakiteeka ku musaalaba, nga kisoma nti: “YESU Omunnazaaleesi, KABAKA WʼABAYUDAAYA.” Ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi nʼekibuga, era Abayudaaya bangi abaasoma ekiwandiiko ekyo kubanga kyali mu Lwebbulaniya, ne mu Lulatini ne Luyonaani. Awo bakabona abakulu abʼAbayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti, ‘Kabaka wʼAbayudaaya,’ naye nti, ‘Oyo eyeeyita Kabaka wʼAbayudaaya.’ ” Piraato nʼaddamu nti, “Ekyo kye mpandiise kye mpandiise.”

Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, nʼayogera nti, “Ennyonta ennuma.”

Bwe yakombako nʼagamba nti, “Kiwedde.” Nʼakutamya omutwe gwe nʼawaayo obulamu bwe.

nʼalaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye enjeru nga batudde; omu emitwetwe nʼomulala emirannamiro wʼekifo omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa. Bamalayika ne bamubuuza nti, “Omukyala, okaabira ki?” Nʼabaddamu nti, “Kubanga baggyeemu Mukama wange, era simanyi gye bamutadde!” Bwe yamala okwogera ebyo, nʼakyuka nʼalaba Yesu ngʼayimiridde, kyokka nʼatamanya nti ye Yesu. Yesu nʼamubuuza nti, “Omukyala okaabira ki? Onoonya ani?” Maliyamu nʼalowooza nti, Ye nannyini nnimiro nʼamugamba nti, “Ssebo, obanga gwʼomuggyeemu, mbuulira gyʼomutadde ŋŋende mmuggyeyo.” Yesu nʼamugamba nti, “Maliyamu!” Maliyamu nʼakyukira Yesu nʼamugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni,” ekitegeeza nti, “Omuyigiriza,”

Akawungeezi ako abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ngʼenzigi nsibe olwʼokutya Abayudaaya, Yesu nʼajja nʼayimirira wakati mu bo. Nʼabagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.”

Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu, era bali mu nnyumba, Tomasi yali nabo. Yesu nʼajja, enzigi nga nsibe, nʼayimirira wakati mu bo nʼabagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe,” Awo nʼagamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.” Tomasi nʼamuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”

Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ngʼabayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino. Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olwʼokumukkiriza mulyoke mube nʼobulamu mu linnya lye.

Yesu nʼabagamba nti, “Kale musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olwʼeryato, mujja ku kukwasa.” Awo ne basuula, naye ne batasobola kukannyulula olwʼebyennyanja ebingi bye baakwasa! Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo nʼagamba Peetero nti, “Oyo Mukama waffe!” Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi.

Waliwo nʼebintu ebirala bingi Yesu bye yakola ebitaawandiikibwa. Era singa nabyo byawandiikibwa kinnakimu, ndowooza nga nʼensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.

Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era nʼabakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ngʼayogera nabo ku bigambo byʼobwakabaka bwa Katonda.

Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba. Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ngʼagenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika, ne boogera nti, “Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako nʼatwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri yʼemu nga bwe mumulabye ngʼagenda mu ggulu.”

“Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli nʼebyamagero ebyʼekitalo, Katonda bye yamukozesanga ngʼali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi. Naye ngʼenteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gyʼabantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba.

bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga nʼomubiri gwe tegwavunda.

Awo bwe yagulumizibwa nʼalaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, nʼaweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, nʼalyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko.

“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”

Bwe mutyo ne mutta aleeta obulamu; oyo ye Katonda yamuzuukiza mu bafu, era ffe bajulirwa.

mutegeere mmwe mwenna nʼabantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda nʼamuzuukiza, era kaakano mulamu. ‘Oyo lyʼEjjinja abazimbi lye baagaana, eryafuuka ekkulu eryʼoku nsonda.’ Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi wʼeggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”

Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu, gwe mwatta nga mumuwanise ku muti. Oyo Katonda nʼamugulumiza okubeera Omulangira era Omulokozi, abeerenga ku mukono gwe ogwa ddyo, okuwa Isirayiri omukisa ogwʼokwenenya nʼokusonyiyibwa ebibi.

Naye Suteefano ngʼajjudde Mwoyo Mutukuvu, nʼatunuulira eggulu enkaliriza, nʼalaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ngʼayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. Nʼabagamba nti, “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, nga nʼOmwana wʼOmuntu ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.”

Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti: “Yatwalibwa ngʼendiga egenda okuttibwa. Ngʼomwana gwʼendiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya, naye bwʼatyo teyayasamya kamwa ke.

Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ngʼababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna.

Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu nʼamaanyi, eyatambula ngʼagenda akola ebirungi, ngʼawonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.”

Oyo Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu era nʼamulaga eri abantu. Teyalabibwa bantu bonna, wabula abajulirwa Katonda be yali amaze okulonda, be baffe abaalya naye, ne tunywa naye ngʼamaze okuzuukira mu bafu. Nʼatutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu yʼoyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi wʼabantu bonna, abalamu nʼabafu. Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti Buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”

Nʼabannyonnyola era nʼabalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona nʼokuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.”

nti Kristo kimugwanira okubonaabona, era abeere omubereberye mu kuzuukira kwʼabafu, alyoke aleetere abantu bano nʼAbamawanga omusana.”

ebyogera ku Mwana we, eyava mu zadde lya Dawudi mu mubiri, eyakakasibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi aga Mwoyo Mutukuvu olwʼokuzuukira kwʼabafu, ye Yesu Kristo Mukama waffe.

Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olwʼokukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo,

Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo nʼatufiirira. Kale obanga twaweebwa obutuukirivu olwʼomusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda. Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kwʼOmwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olwʼobulamu bwe? So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.

Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda. Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.

Empeera yʼekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okwʼomubiri wabula ne bagoberera Omwoyo. Kubanga etteeka eryʼOmwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka lyʼekibi nʼokufa. Amateeka ga Musa kye gataayinza kukola, olwʼokunafuyizibwa omubiri, Katonda yakikola mu Mwana we yennyini bwe yamutuma mu kifaananyi kyʼomubiri ogwʼekibi, nʼasalira ekibi omusango mu mubiri.

Ani alitwawukanya nʼokwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwerere, oba kabi, oba kitala?

Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya nʼokwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.

Balina bajjajjaabwe abamanyiddwa, Kristo be yasibukamu mu mubiri. Nsaba Katonda afuga byonna atenderezebwenga emirembe gyonna, Amiina.

Bwʼoyatula nʼakamwa ko nti, Yesu ye Mukama, nʼokkiriza nʼomutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka.

Kubanga ekyo Kristo kye yafiira ate nʼabeera omulamu, alyoke abeere Mukama wʼabo abaafa era nʼabalamu.

Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si ku lwa ngʼomusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo. Ekigambo kyʼomusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda.

naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, naye eri abaayitibwa, Abayudaaya nʼAbamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda.

Kyokka ku bwʼoyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, nʼokutukuzibwa, nʼokununulibwa,

Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa.

tewali nʼomu ku bafuzi abʼomulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama owʼekitiibwa.

Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo nʼamaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe.

Muggyeemu ekizimbulukusa ekyʼedda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa; kubanga Kristo ye ndiga eyaweebwayo ngʼekiweebwayo ekyʼOkuyitako ku lwaffe.

Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.

Noolwekyo njagala mutegeere nti Tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda nʼayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali nʼomu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.

Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo. Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, nʼabookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola ebyʼamagero, ne kuddako abalina ebirabo ebyʼokuwonya endwadde, nʼokuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era nʼaboogezi bʼennimi.

Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olwʼebibi byaffe, ngʼEbyawandiikibwa bwe bigamba, era nti Yaziikibwa, nʼazuukizibwa ku lunaku olwokusatu ngʼEbyawandiikibwa bwe bigamba, era nti yalabibwa Keefa nʼoluvannyuma ekkumi nʼababiri. Era yalabibwa abooluganda abasukka ebikumi ebitaano omulundi gumu era abamu ku abo bakyali balamu newaakubadde ngʼabalala baafa.

Kyokka ddala Kristo yazuukizibwa mu bafu, era bye bibala ebibereberye ebyʼabo abaafa. Kuba ngʼokufa bwe kwaleetebwa omuntu, era nʼokuzuukira kwʼabafu kwaleetebwa muntu. Kuba ngʼabantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo. Kyokka buli omu mu luwalo lwe, Kristo ye yasooka era bwʼalijja ababe ne baddako, olwo enkomerero nʼeryoka etuuka, Kristo nʼakwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ngʼamaze okuzikiriza obufuzi bwonna, nʼobuyinza bwonna era nʼamaanyi gonna. Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bwʼalissa abalabe be bonna wansi wʼebigere bye. Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa. Kubanga yassa ebintu byonna wansi wʼebigere bye. Naye bwʼagamba nti ebintu byonna biri wansi we, kitegeeza nti aggyeko oli eyʼamusobozesa okufuga ebintu byonna. Katonda bwʼalimala okussa byonna mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Omwana we, nʼalyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda nʼalyoka afugira ddala byonna.

Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga nʼokutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo.

Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. Katonda wʼemirembe gino yazibikira ebirowoozo byʼabo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri eyʼekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda. Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala ekyʼokumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.

Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso gʼentebe ya Kristo eyʼokusalirako omusango, buli muntu asalirwe olwʼebyo bye yakola ngʼakyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi.

Noolwekyo omuntu yenna bwʼabeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; ebyʼedda nga bigenze, laba ngʼafuuse muggya.

Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.

Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.

kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.

Kristo yatununula okuva mu kikolimo kyʼamateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.”

Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda nʼatuma Omwana we eyazaalibwa omukazi ngʼafugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana.

ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe owʼekitiibwa, abawe Omwoyo owʼamagezi nʼokubikkulirwa mweyongere okumutegeera. Nnyongera okubasabira, amaaso gʼemitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi lyʼokuyitibwa kwammwe, nʼobugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu nʼabantu ba Katonda bonna. Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ngʼokukola kwʼobuyinza bwʼamaanyi ge bwe kuli, amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, nʼamutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu. Waggulu eyo, Kristo gyʼafugira obufuzi bwonna, nʼobuyinza bwonna, nʼamaanyi gonna, nʼobwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. Katonda atadde ebintu byonna wansi wʼebigere bye, nʼafuula Kristo omutwe gwʼebintu byonna ebyʼekkanisa, era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.

Mwazimbibwa ku musingi ogwʼabatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu lyʼejjinja ekkulu eryʼoku nsonda. Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe. Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo kyʼazimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.

Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, nʼayisa waggulu wʼeggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bwʼensi yonna.

Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gwʼEkkanisa. Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ngʼekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala.

Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa. Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe nʼafuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.

kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.

Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu, ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda, Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda, wabula yeewaayo nʼafuuka ngʼomuddu, era nʼazaalibwa ngʼomuntu, era nʼalabikira mu kifaananyi kyʼomuntu, ne yeetoowaza, nʼaba muwulize nʼokutuukira ddala ku kufa, ate okufa okwʼokukomererwa ku musaalaba. Katonda kyeyava amugulumiza, nʼamuwa erinnya erisinga amannya gonna; buli vviivi eryʼabo abali mu ggulu nʼabali ku nsi, era nʼabali wansi wʼensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi gʼokuzuukira kwe, nga nsuubira nga nange ndizuukira.

Katonda eyatuwonya nʼatuggya mu maanyi gʼekizikiza aga Setaani, nʼatutwala mu bwakabaka bwʼOmwana we omwagalwa, atusonyiwa ebibi byaffe, nʼatufuula ba ddembe. Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika nʼebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba abʼobuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa. Ye gwe mutwe gwʼomubiri, nʼomubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna. Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye, era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gyʼali. Yaleetawo emirembe olwʼomusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye ebyʼensi nʼebyʼomu ggulu.

Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo. Mu Kristo mwe mukwekeddwa ebyʼobugagga byonna ebyʼamagezi nʼokumanya.

Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okwʼObwakabaka mwe kulabikira mu mubiri, era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gwʼobufuzi bwonna nʼobuyinza bwonna.

nʼaggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi nʼabʼobuyinza abʼomu bbanga, nʼabaswaza mu lwatu, nʼabawangulira ddala.

Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gyʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya wʼabantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu.

Tewali kubuusabuusa ekyama kyʼokutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti: “Yalabisibwa mu mubiri, nʼakakasibwa Omwoyo nga bwʼatuukiridde, nʼalabibwa bamalayika, nʼalangibwa mu mawanga, nʼakkirizibwa mu nsi, era nʼatwalibwa nʼekitiibwa mu ggulu.”

okuumenga ekiragiro nga tekiriiko bbala, wadde ekyʼokunenyezebwa okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo, kwʼaliraga mu ntuuko zaakwo, aweebwa omukisa era nnannyini buyinza yekka, Kabaka wa bakabaka bonna, era Mukama wa bakama, ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali nʼomu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, nʼobuyinza obutaggwaawo, Amiina.

Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu nʼabafu omusango, era nʼolwʼokujja kwe, nʼolwʼobwakabaka bwe,

nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, nʼokulabika kwʼekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;

Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ezʼenjawulo ngʼayita mu bannabbi; naye mu nnaku zino ezʼoluvannyuma yayogera naffe ngʼayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi nʼebintu byonna ebirimu. Amasamasa nʼekitiibwa kya Katonda, era kyʼekifaananyi kye ddala bwʼali, era abeezaawo buli kintu olwʼekigambo kyʼamaanyi ge. Bwe yamala okukola ekikolwa ekyʼokututukuza okuva mu bibi, nʼatuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obwʼomu ggulu.

Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde?” Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gyʼali naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?” Era nate bwʼaleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti, “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”

Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo eyʼObwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe nʼemirembe; obutuukirivu, gwe muggo ogwʼobwakabaka bwo. Wayagala obutuukirivu nʼokyawa obujeemu. Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako amafuta agʼomuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.” Ayongera nʼagamba nti, “Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gwʼensi, era nʼeggulu mirimu gwa mukono gwo. Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna, era byonna birikaddiwa ngʼekyambalo bwe kikaddiwa. Era olibizingako ngʼekooti bwe zingibwako, era birikyusibwa ngʼekyambalo bwe kikyusibwa. Naye ggwe oba bumu, so nʼemyaka gyo tegirikoma.”

Yabonaabona, ye yennyini ngʼakemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.

Kale abooluganda abatukuvu, Katonda bʼayise, mulowoozenga ku Yesu, Omutume Omukulu era Kabona Asinga Obukulu, gwe twatula.

Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula. Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka nʼatakola kibi kyonna.

Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogwʼobuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bwʼakaaba amaziga mu ddoboozi eryʼomwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda nʼawulira okusaba kwe. Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona. Era bwe yamala okutuukirizibwa, nʼafuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda. Katonda yamuyita okuba Kabona Asinga Obukulu ngʼolubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.

Naye olwokubanga Yesu abeerera emirembe gyonna, alina obwakabona obutakyukakyuka. Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolereza. Noolwekyo Kabona Asinga Obukulu afaanana bwʼatyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko musango, wadde ebbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu, ataliiko kye yeetaaga ekya buli lunaku, nga bakabona abakulu abalala, okusooka okuwangayo ssaddaaka olwʼebibi bye ye, nʼoluvannyuma olwʼebyo ebyʼabantu abalala. Ekyo yakikola omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini. Amateeka gaalondanga abantu okuba Bakabona Abasinga Obukulu nʼobunafu bwabwe, naye ekigambo ekyʼekirayiro, ekyaddirira amateeka, kironda Omwana eyatuukirira okutuusa emirembe gyonna.

Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogwʼentebe ya Katonda eyʼobwakabaka mu ggulu,

Singa endagaano eyasooka teyaliiko kyakunenyezebwa, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri. Kubanga bwʼabanenya ayogera nti, “Laba ennaku zijja,” bwʼayogera Mukama, “ndiragaana endagaano empya nʼennyumba ya Isirayiri, awamu nʼennyumba ya Yuda.

Katonda bwʼayogera ku ndagaano empya, olwo ngʼandibizza eyʼedda; nʼeyo gyʼadibizza nʼokukaddiwa nʼekaddiwa, eriggwaawo.

Kristo yajja nga Kabona Asinga Obukulu owʼebintu ebirungi ebyali bigenda okujja. Yayingira mu weema esinga obukulu nʼokutuukirira, etaakolebwa na mikono gya bantu, etali ya mu nsi muno. Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogwʼente ennume, naye yayingira mu Watukuvu wʼAwatukuvu omulundi gumu gwokka nʼomusaayi gwe; bwʼatyo ye yennyini nʼatufunira obulokozi obutaggwaawo.

Noolwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, okufa bwe kwabaawo olwʼokununulibwa okuva mu byonoono ebyʼomu ndagaano eyasooka, abo abaayitibwa abʼobusika obutaggwaawo balyoke baweebwe ekisuubizo. Kubanga ekiraamo kiteekebwa mu nkola ngʼeyakikola amaze kufa. Kubanga kikola ngʼeyakikola afudde, kubanga tekiba na makulu eyakikola bwʼaba ngʼakyali mulamu. Era nʼendagaano eyʼolubereberye teyakolebwa awatali musaayi.

Era mu mateeka buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.

Kubanga Kristo teyayingira mu kifo kya Watukuvu wʼAwatukuvu ekyakolebwa nʼemikono gyʼabantu, naye yayingira mu ggulu mwennyini gyʼali kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe.

era ne Kristo bwʼatyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi byʼabantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.

naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka eyʼemirembe gyonna, olwʼebibi, nʼalyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu wʼAwatukuvu olwʼomusaayi gwa Yesu, eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe, kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga yʼafuga ennyumba ya Katonda,

nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era yʼakutuukiriza, olwʼessanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ngʼanyooma ensonyi, nʼatuula ku luuyi olwa ddyo olwʼentebe ya Katonda. Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okwʼabakozi bʼebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima.

nʼeri endagaano empya eya Yesu omutabaganya, eyʼomusaayi ogwamansirwa ogwogera obulungi okusinga ogwa Aberi.

Yesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bwʼali era bwʼaliba emirembe nʼemirembe.

Kale, Katonda owʼemirembe eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba wʼendiga omukulu owʼendagaano etaggwaawo gye yanyweza nʼomusaayi gwe, abawe buli kirungi kyonna kye mwetaaga okubasobozesa okukola byʼayagala, era atukozese ebisiimibwa mu maaso ge ngʼayita mu Yesu Kristo. Aweebwenga ekitiibwa emirembe nʼemirembe. Amiina.

Abooluganda, mmwe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama owʼekitiibwa, temusosolanga mu bantu.

Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olwʼokusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olwʼokuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu. Bwʼatyo nʼatusuubiza omugabo mu busika, ogwʼolubeerera ogutakyusa langi era ogutafuma, gwʼatuterekedde mu ggulu. Era Katonda, mu buyinza bwe, alibakuuma olwʼokukkiriza kwammwe, nʼabatuusa mu bulokozi obwateekebwateekebwa okubikkulirwa mu biro ebyʼenkomerero.

Wabula mwanunulibwa nʼomusaayi gwa Kristo ogwʼomuwendo omungi ennyo, ogwʼomwana gwʼendiga ogutaliiko kamogo oba ebbala. Kristo yategekebwa dda nga nʼensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita nʼalabisibwa ku lwammwe. Mu ye, mwe mwayita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza mu bafu, nʼamuwa ekitiibwa, era okukkiriza kwammwe nʼokusuubira kwammwe kyebivudde binywerera ku Katonda.

Mujje gyʼali kubanga ye lyʼejjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti Terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era eryʼomugaso omunene ennyo. Mujje gyʼali nga muli ngʼamayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba eyʼomwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka eyʼomwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe. Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni, ejjinja eryʼoku nsonda eryʼomuwendo omungi eddonde, oyo eyeesiga Kristo, taliswazibwa.”

Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza, naye eri abatakkiriza “Lye jjinja abazimbi lye batasaako mwoyo, lyʼeryo eryafuuka eryʼoku nsonda.” Era “Lye jjinja abantu lye beekoonako, lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe kyʼateekebwateekebwa.

Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, nʼabalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera. “Kristo teyakola kibi wadde okwogera ebyobukuusa.” Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza. Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olwʼebiwundu bye, mwawonyezebwa. Kubanga mwali muwabye ngʼendiga, naye kaakano mukomezebbwaawo eri Omusumba era alabirira obulamu bwammwe.

Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olwʼebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lwʼabatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka nʼabeera mulamu mu mwoyo.

Amazzi ago gaali kabonero akʼokubatizibwa mulyoke mulokolebwe kaakano. Kubanga okubatizibwa tekitegeeza kunaazibwako kko lya mubiri, wabula kitegeeza kwewaayo eri Katonda nga tumaliridde okukola byʼayagala, ngʼatuwadde omutima omulongoofu olwʼokuzuukira kwa Yesu Kristo, eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼafuga bamalayika nʼaboobuyinza, nʼabaamaanyi abʼomu ggulu.

Nze Simooni Peetero omuddu era omutume wa Yesu Kristo mpandiikira abo abaafuna okukkiriza okwʼomuwendo nga ffe, mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, ekisa nʼemirembe byeyongerenga mu mmwe nga mutegeera Katonda ne Yesu Mukama waffe.

Era mulyanirizibwa nʼessanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.

Kubanga tetwagoberera ngero bugero ezaagunjibwa wabula twabategeeza ebyo bye twalabirako ddala, ebyʼamaanyi nʼokukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era nʼobukulu bwe. Kubanga Katonda Kitaffe yamuwa ekitiibwa nʼettendo, eddoboozi bwe lyawulikika okuva mu ggulu mu kitiibwa ekingi ekimasamasa nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano nʼemirembe gyonna. Amiina.

Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bwʼakolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu. Ye, ye mutango olwʼebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lwʼebibi byʼabantu bonna.

Naye mmwe mumanyi nti ye, yalabisibwa alyoke aggyewo ebibi. Era mu ye, temuliimu kibi.

Era tumanyi ngʼOmwana wa Katonda yajja mu nsi, nʼatuwa okutegeera tumanye Katonda owʼamazima, era tuli mu oyo Katonda owʼamazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda owʼamazima nʼobulamu obutaggwaawo.

Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olwʼamaanyi ge nʼobuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.

Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya. Mbagaliza ekisa nʼemirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; nʼebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso gʼentebe ye eyʼobwakabaka, era nʼokuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era yʼafuga bakabaka abʼomu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe nʼomusaayi gwe, nʼatufuula obwakabaka bwʼobwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa nʼobuyinza bibeerenga eri oyo emirembe nʼemirembe. Amiina. Laba, ajja nʼebire, na buli liiso lirimulaba, nʼabaamufumita balimulaba, era nʼamawanga gonna ku nsi galimukungubagira. Weewaawo. Amiina!

“Nze Alufa ne Omega,” bwʼayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”

nga ligamba nti, “Byʼolaba, biwandiike mu kitabo, okiweereze eri Ekkanisa omusanvu: Ekkanisa eyʼomu Efeso, nʼeyʼomu Sumuna, nʼeyʼomu Perugamo, nʼeyʼomu Suwatira, nʼeyʼomu Saadi, nʼeyʼomu Firaderufiya nʼeyʼomu Lawodikiya.”

Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo byʼettaala ebya zaabu musanvu. Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu “eyali ngʼOmwana wʼOmuntu” eyali ayambadde ekyambalo ekiwanvu ekikoma ku bigere, nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu. Omutwe gwe nʼenviiri ze byali byeru ngʼebyoya byʼendiga ebyeru, era nga bifaanana ngʼomuzira, nʼamaaso ge nga gali ngʼennimi zʼomuliro. Ebigere bye byali ngʼekikomo ekizigule ekyakaayakana mu muliro nʼeddoboozi lye nga liyira ngʼamazzi amangi. Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ngʼalina ekitala ekyogi ekyʼobwogi obubiri mu kamwa ke; nʼekyenyi kye nga kiri ngʼenjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo.

Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ngʼafudde, kyokka ye nʼanteekako omukono gwe ogwa ddyo nʼaŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero, era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo ebyʼokufa nʼamagombe.

Awo omu ku bakadde abiri mu abana nʼaŋŋamba nti, “Lekeraawo okukaaba, kubanga, laba, empologoma eyʼomu kika kya Yuda, owʼomu lulyo lwa Dawudi, yawangula, era yʼayinza okukutula obubonero omusanvu obwʼenvumbo nʼokuzingulula omuzingo gwʼekitabo.” Ne ndaba nga ali ngʼOmwana gwʼEndiga ngʼattiddwa ngʼayimiridde wakati wʼentebe eyʼobwakabaka nʼebiramu ebina, ne wakati wʼabakadde, ngʼalina amayembe musanvu nʼamaaso musanvu, gyʼemyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu ekyʼensi.

Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti, “Ggwʼosaanidde okutoola omuzingo gwʼekitabo, nʼokusumulula ebigusibye nʼokuguzingulula, kubanga wattibwa, omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika, na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi.

Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi nʼenkumi, nʼenkuyanja nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka awamu nʼebiramu biri nʼabakadde bali. Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omwana gwʼEndiga eyattibwa, asaanidde okuweebwa obuyinza, nʼobugagga, nʼamagezi nʼamaanyi, nʼekitiibwa, nʼettendo nʼokwebazibwa!” Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi wʼensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, nʼettendo, nʼekitiibwa, nʼamaanyi byʼOyo atudde ku ntebe yʼobwakabaka awamu nʼOmwana gwʼEndiga, emirembe nʼemirembe.” Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” Nʼabakadde ne bavuunama ne bamusinza.

Oluvannyuma lwʼebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kyʼabantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina nʼenkindu mu ngalo zaabwe. Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nga bagamba nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe eyʼobwakabaka era bwa Mwana gwʼEndiga.” Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka nʼabakadde era nʼebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ngʼebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda.

kubanga Omwana gwʼEndiga ayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka, yʼanaabeeranga omusumba waabwe era yʼanaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ezʼamazzi agʼobulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”

Awo malayika owʼomusanvu nʼafuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti, “Obwakabaka bwʼensi eno kati bufuuse bwa Mukama waffe ne Kristo we, era anaafuganga emirembe nʼemirembe.”

Ne bamuwangula olwʼomusaayi gwʼOmwana gwʼEndiga, nʼolwʼekigambo ekyʼobujulirwa bwabwe, ne bawaayo obulamu bwabwe nga tebatya na kufa.

Awo ne ndaba Omwana gwʼEndiga ngʼayimiridde ku lusozi Sayuuni, ngʼali nʼabantu emitwalo kkumi nʼena mu enkumi nnya (144,000), ngʼerinnya lye nʼerya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi byʼabantu abo.

Ne ndaba, era laba, ekire ekyeru era nga kiriko akituddeko eyali afaanana ngʼOmwana wʼOmuntu eyalina engule eya zaabu ku mutwe gwe era ngʼakutte ekiwabyo ekyogi mu mukono gwe.

Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gwʼEndiga, kyokka Omwana gwʼEndiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.”

Ne ndaba eggulu nga libikkuse era laba embalaasi enjeru ngʼagyebagadde ayitibwa Omwesigwa era Owʼamazima, asala omusango mu butuukirivu era mulwanyi wa kitalo mu ntalo. Amaaso ge gaali ngʼolulimi lwʼomuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ngʼalina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga yʼalimanyi. Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ngʼerinnya lye ye Kigambo wa Katonda. Abʼeggye eryʼomu ggulu abaali bambadde engoye eza linena omulungi ennyo enjeru, nabo ne bamugoberera nga beebagadde embalaasi enjeru. Mu kamwa ke mwavaamu ekitala ekyʼobwogi ekyʼokutemesa amawanga. “Alibafuga nʼomuggo ogwʼekyuma.” Alirinnya ku ssogolero lyʼomwenge ogwʼobusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna. Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti: “KABAKA WA BAKABAKA ERA MUKAMA WA BAKAMA.”

Oyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka nʼagamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era nʼaŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!” Nʼaŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ezʼamazzi amalamu, agʼobuwa.

Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe eyʼobwakabaka eya Katonda nʼeyʼOmwana gwʼEndiga ziribeera eyo, nʼabaddu be balimuweereza,

“Laba, nzija mangu nsasule buli omu ngʼebikolwa bye bwe biri. Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.

“Nze Yesu, owʼomu kikolo era owʼomu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka eyʼEnkya.”

Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!” Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu! Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga ne bonna. Amiina.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net