20 – Okusaba
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Okusaba.
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Okusaba.
Kubanga abatuukirivu Mukama abatunuulira nʼekisa, nʼamatu ge gawuliriza bye basaba. Kyokka aboonoonyi abatunuuliza bukambwe.”
”Ya mukulu wa Bayimbi: ya ndere. Zabbuli ya Dawudi Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama; olowooze ku kunyolwa kwange. Wuliriza eddoboozi lyʼomulanga gwange, Ayi Kabaka wange era Katonda wange: kubanga ggwe gwe nsaba. Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange; buli nkya ndeeta gyʼoli okusaba kwange, ne nnindirira onziremu.
”Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti, Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya Lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. Byʼoyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu. Tuwe emmere yaffe eya leero. Tusonyiwe ebyonoono byaffe nga naffe bwe tusonyiwa abatwonoona. Totuganya kukemebwa naye tulokole eri omubi.
”Ibulayimu nʼaddamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu nʼevvu!
”Nʼasaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu mpa obuwanguzi leero nkwegayiridde, olage mukama wange Ibulayimu okwagala kwo okutaggwaawo. Laba nnyimiridde okumpi nʼoluzzi, ne bawala bʼabantu abʼomu kibuga bajja okusena amazzi. Kale omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde mpa ku mazzi agʼomu nsuwa yo nnyweko,’ nʼamala agamba nti, ‘Kale nnywa, era nʼeŋŋamira zo nnaazinywesa,’ oyo yʼaba abeera gwʼolonze okuba mukazi wʼomuddu wo Isaaka. Ku kino kwe nnaategeerera nti olaze mukama wange ekisa kyo ekitaggwaawo.” Laba, bwe yali nga tannamaliriza kusaba, Lebbeeka muwala wa Besweri mutabani wa Mirika muka Nakoli, muganda wa Ibulayimu, nʼajja ngʼatadde ensuwa ye eyʼamazzi ku kibegabega kye.
”Isaaka nʼasaba Mukama ku lwa mukazi we Lebbeeka kubanga yali mugumba, Katonda nʼawulira okusaba kwe, Lebbeeka naaba olubuto.
”Ye Yakobo nʼasigala yekka, omusajja nʼameggana naye okutuusa obudde okukya. Omusajja bwe yalaba nga taasobole Yakobo, nʼakoma ku kinywa kyʼekisambi kye. Yakobo nʼatandika okuwenyera nga bwʼameggana nʼomusajja. Omusajja nʼalyoka agamba Yakobo nti, “Ndeka ŋŋende kubanga obudde bugenda kukya.” Naye Yakobo nʼayogera nti, “Sijja kukuta nga tompadde mukisa.” Omusajja nʼamubuuza nti, “Erinnya lyo gwʼani?” Nʼamuddamu nti, “Yakobo.” Awo nʼamugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu nʼabantu nʼowangula.” Awo ne Yakobo nʼamugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye nʼamuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?” Awo nʼamuwa omukisa. Yakobo ekifo ekyo kyeyava akiyita Penieri, ngʼagamba nti, “Kubanga ndabaganye ne Katonda, kyokka obulamu bwange ne busigalawo.”
”Musa nʼabeera eyo ne Mukama, nʼamalayo emisana amakumi ana nʼebiro amakumi ana, nga talya mmere wadde okunywa amazzi. Nʼawandiika ku bipande ebigambo ebyʼEndagaano, ge Mateeka Ekkumi.
”Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda owʼemyoyo egyʼabantu bonna, omuntu omu bwʼayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?”
”Naye ngʼoli eyo, bwʼonoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga nʼomutima gwo gwonna awamu nʼomwoyo gwo gwonna. Ebintu ebyo byonna bwe binaakutuukangako nʼolaba ennaku nnyingi, olwo onookomangawo eri Mukama Katonda wo mu biseera ebyʼoluvannyuma, nʼomugonderanga. Kubanga Mukama Katonda wo ajjudde okusaasira, taakusuulirirenga wadde okukuzikiriza, oba okwerabira endagaano ye gye yakola ne bajjajjaabo gye yabalayiririra.
”Bwe nalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande ebyʼamayinja, nga bye byaliko endagaano Mukama Katonda gye yali alagaanye nammwe, ne mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana nʼekiro, saalya ku mmere wadde okunywa ku mazzi.
”Ate ne nziramu okweyala wansi awali Mukama Katonda nga bwe nakola olubereberye ku Lusozi Sinaayi, Mukama bwe yali amaliridde okubazikiririza ddala yeefunire eggwanga eddala; ne sirya ku mmere wadde okunywa ku tuzzi okumala ennaku amakumi ana emisana nʼekiro, olwʼekibi kye mwali mukoze, bwe mwakola ebitasaana mu maaso ga Mukama Katonda ne mumusunguwaza.
”Bwe ntyo ne nambaala ku ttaka nga neevuunise mu maaso ga Mukama, okumala ennaku amakumi ana emisana nʼekiro; kubanga Mukama Katonda yali agambye nti ajja kubazikiriza.
”Nabeerayo ku lusozi ne mmalayo ennaku amakumi ana, emisana nʼekiro, ngʼomulundi guli ogwasooka. Ne ku mulundi guno Mukama yampuliriza. Mukama Katonda yali tayagala kukuzikiriza.
”Yoswa nʼabakulembeze bʼAbayisirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beesiiga enfuufu mu mitwe gyabwe era ne beeyala ku ttaka mu maaso gʼEssanduuko ya Mukama okuzibya obudde.
”Awo abaana ba Isirayiri bonna nʼabantu bonna, ne bambuka okulaga e Beseri, ne bakaabira Mukama Katonda ne batuula eyo mu maaso ge ne basiiba olunaku olwo okutuusa akawungeezi, lwe baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo olwʼemirembe mu maaso ga Mukama.
”Mukama nʼajja nate, nʼamukoowoola ngʼolubereberye nti, “Samwiri! Samwiri!” Samwiri nʼaddamu nti, “Yogera, Ayi Mukama kubanga omuweereza wo awulira.”
”Nze ku lwange, kikafuuwe, okwonoona eri Mukama ne ssibasabira; nnaabalaganga ekkubo ettuufu era eggolokofu.
”Awo Sulemaani nʼayimirira mu maaso gʼekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isirayiri nga kiraba, nʼayanjuluza emikono gye eri eggulu, nʼayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tewali Katonda akufaanana mu ggulu waggulu oba wansi ku nsi, gwe akuuma endagaano yo eyʼokwagala nʼokuuma nʼabaddu bo abatambulira mu maaso go nʼemitima gyabwe gyonna.
”Awo Sulemaani bwe yamala okusaba nʼokwegayiririra abantu eri Mukama, nʼasituka okuva we yali afukamidde ngʼemikono gye ajanjuluza eri eggulu, mu maaso gʼekyoto kya Mukama.
”Mu kiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi, nnabbi Eriya nʼasembera mu maaso nʼasaba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isirayiri, olwa leero kimanyibwe nti Ggwe Katonda mu Isirayiri, era nti nze muddu wo, era nkoze ebintu bino byonna olwʼekigambo kyo. Onziremu, Ayi Mukama, onziremu, abantu bano bamanye, Ayi Mukama nti Ggwe Katonda, era nti ggwe okyusa emitima gyabwe okudda gyʼoli.” Omuliro gwa Mukama ne gulyoka gugwa ne gwokya ekiweebwayo, nʼenku, nʼamayinja, nʼettaka, ne gumalirawo ddala nʼamazzi mu lusalosalo. Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!”
”Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire; ozibule amaaso go Ayi Mukama, olabe; owulire ebigambo bya Sennakeribu, byayogedde ngʼavvoola Katonda omulamu.
”Kaakano, Ayi Mukama, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wekka.”
”Keezeekiya ne yeekyusa nʼatunuulira ekisenge, ne yeegayirira Mukama ngʼagamba nti, “Jjukira, Ayi Mukama Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa nʼomutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” Keezeekiya nʼakaaba nnyo.
”Yabezi nʼakoowoola Katonda wa Isirayiri ngʼagamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda nʼaddamu okusaba kwe.
”Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
”Mutunuulire Mukama nʼamaanyi ge; munoonye amaaso ge ennaku zonna.
”“Weebaze Mukama kubanga mulungi; era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
”Be baayimiriranga okwebazanga nʼokutenderezanga Mukama buli nkya na buli akawungeezi,
”Awo Sulemaani nʼayimirira mu maaso gʼekyoto kya Mukama mu maaso gʼekibiina kyonna ekya Isirayiri, nʼayimusa emikono gye. Yali akoze ekituuti ekyʼekikomo, ekyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu nʼobugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu, nʼobugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, era ngʼakitadde wakati mu luggya olwʼebweru era kye yali ayimiriddeko. Nʼafukamira mu maaso gʼekibiina kyonna ekya Isirayiri, nʼayimusa emikono gye eri eggulu. Nʼayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri tewali Katonda akufaanana mu ggulu newaakubadde ku nsi, atuukiriza endagaano ye eyʼokwagala eri abaddu be abatambulira mu maaso ge nʼemitima gyabwe gyonna.
”Wuliriza okusaba kwʼomuddu wo nʼokwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange, owulire okusaba kwʼomuddu wo kwasaba gyʼoli. Amaaso go gatunuulirenga eyeekaalu eno emisana nʼekiro, ekifo kye wayogerako nti oliteeka omwo Erinnya lyo, era owulire okusaba kwʼomuddu wo eri ekifo kino. Wulira kaakano okwegayirira kwʼomuddu wo nʼokwʼabantu bo Isirayiri, bwe banaabanga basaba nga batunuulidde ekifo kino; owulirenga okuva mu kifo eyo gyʼobeera, era bwʼowuliranga, osonyiwenga.”
”ne wabaawo okusaba oba okwegayirira okwʼengeri zonna okukoleddwa omuntu yenna, oba abantu bo bonna Isirayiri, nga buli omu ategedde endwadde ye, nʼobuyinike bwe, era ngʼayanjulurizza engalo ze eri yeekaalu eno, kale owulirenga ngʼosinziira mu ggulu gyʼobeera osonyiwe, era osasule buli muntu ngʼebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka gwʼomanyi emitima gyʼabaana bʼabantu; balyoke bakutyenga, era batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze banaabeeranga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.”
”“Kaakano Katonda wange, amaaso go gazibukenga, nʼamatu go gawulirenga okusaba okunaaweerwangayo mu kifo kino.”
”abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe. Era amaaso gange ganaazibukanga, nʼamatu gange ganaawuliranga esaala ezinaawebwangayo mu kifo kino.
”Lekobowaamu nʼakola ebibi, nʼatamalirira kunoonya Mukama mu mutima gwe.
”Awo Asa nʼakoowoola Mukama Katonda we ngʼagamba nti, “Mukama, tewali akwenkana mu kuyamba abanafu, nga balumbiddwa abʼamaanyi. Tuyambe Ayi Mukama Katonda waffe, kubanga twesize ggwe, era mu linnya lyo tuzze okutabaala eggye lino eddene. Ayi Mukama, oli Katonda waffe, toganya muntu yenna okutuwangula.”
”Ne beeyama okunoonyanga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, nʼomutima gwabwe gwonna, nʼemmeeme yaabwe yonna.
”Awo bakabona nʼAbaleevi ne bayimirira ne basabira abantu omukisa, Katonda nʼabawulira; kubanga okusaba kwabwe kwatuuka mu kifo kye ekitukuvu gyʼabeera, mu ggulu.
”Awo Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi ne basaba nga bakaabira eri eggulu ku nsonga eyo.
”Awo ku mugga Akava, ne nangirira okusiiba, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, nga tumwegayirira okubeera awamu naffe nʼabaana baffe nʼebintu byaffe byonna mu lugendo lwaffe. Nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka abaserikale abakuumi abʼebigere nʼabeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe, kubanga twali tumutegeezeza nti, “Omukono omulungi ogwa Katonda waffe gubeera ku buli muntu amunoonya, naye obusungu bwe bubeera ku abo abamujeemera.” Kyetwava tusiiba ne twegayirira Katonda waffe ku nsonga eyo, era nʼaddamu okusaba kwaffe.
”Awo mu kiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi ne ngolokoka okuva we nnali ntudde, nʼekkanzu yange enjulifu nʼomunagiro gwange omuyulifu, ne nfukamira ne ngolola emikono gyange eri Mukama Katonda wange, ne nsaba nti; “Ayi Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, era sisobola kuyimusa maaso gange eri gwe Katonda wange, kubanga obutali butuukirivu bwaffe busukiridde emitwe gyaffe, nʼomusango gwaffe gutuuse mu ggulu.
”Ezera nʼagolokoka nʼava mu maaso gʼennyumba ya Katonda nʼagenda mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu, naye nʼatalya mmere newaakubadde okunywa amazzi ngʼakyanakuwalidde obutali bwesigwa bwʼabaawaŋŋangusibwa.
”Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula wansi ne nkaaba, ne mmala ebiro nga nnakuwadde, nga nsiiba era nga nsaba mu maaso ga Katonda wʼeggulu. Ne njogera nti, “Ayi Mukama Katonda wʼeggulu, Katonda omukulu owʼentiisa, akuuma endagaano ye, era ayagala abo abagondera amateeka ge. Ozibule amaaso go, otege okutu okuwulira okusaba kwʼomuddu wo kwe nsaba mu maaso go emisana nʼekiro ku lwa baddu bo abantu ba Isirayiri. Njatula ebibi bye twakola, ffe Abayisirayiri, nga nange nʼennyumba ya kitange mwe tuli.
”Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu; abantu bonna ne bayimusa emikono gyabwe ne baddamu nti, “Amiina! Amiina!” Ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka ne basinza Mukama.
”Awo ku lunaku olwʼamakumi abiri mu ennya mu mwezi gwe gumu, Abayisirayiri ne bakuŋŋaana ne basiiba, nga bambadde ebibukutu era nga beesiize enfuufu ku mitwe gyabwe. Abʼezzadde lya Isirayiri beeyawula ku bannamawanga bonna, ne bayimirira mu bifo byabwe ne baatula ebibi byabwe nʼobutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe.
”Mu buli kitundu ekiragiro kya Kabaka nʼetteeka lye gye byatuukanga ne waba okukuba ebiwoobe bingi nʼokusiiba nʼokukaaba amaziga mangi mu Bayudaaya era bangi ku bo ne bambala ebibukutu.
”“Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susani, musiibe ku lwange, so temulya wadde okunywa ekintu emisana nʼekiro okumala ennaku ssatu. Nze nʼabaweereza bange abakyala tunaasiibira wamu nammwe. Ekyo nga kiwedde, ndigenda eri Kabaka, newaakubadde nga tekikkirizibwa mu mateeka. Bwe ndiba owʼokuzikirira, nzikirira.”
”Yobu olwawulira bino byonna, nʼagolokoka nʼayuza ebyambalo bye nʼamwa omutwe gwe, nʼavuunama nʼasinza:
”Naye nze, nzija kunoonya Katonda era mmulekere ensonga zange. Akola ebikulu, ebitanoonyezeka, ebyewuunyisa ebitabalika.
”Kyokka bwʼonoonoonya Katonda, ne weegayirira oyo Ayinzabyonna,
”“Naye bwʼowaayo omutima gwo gyʼali, nʼogolola emikono gyo gyʼali,
”Kale nno ompite nzija kukuddamu, oba leka njogere ggwe onziremu.
”Olimusaba, alikuwulira, era olituukiriza obweyamo bwo.
”Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira nʼaddamu kukaaba kwʼabasajja abʼamalala abakozi bʼebibi. Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu; Ayinzabyonna takufaako.
”Awo Mukama nʼaggyawo ennaku ya Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye. Mukama nʼawa Yobu ebintu emirundi ebiri okusinga bye yalina okusooka.
”Nkoowoola Mukama nʼeddoboozi eryʼomwanguka, nʼannyanukula ngʼasinziira ku lusozi lwe olutukuvu.
”Ya mukulu wa Bayimbi: nʼebivuga ebyʼenkoba. Zabbuli ya Dawudi Bwe nkukoowoola onnyanukule, Ayi Katonda wange omutuukirivu. Bwe mba mu nnaku, onnyambe. Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.
”Ya mukulu wa Bayimbi: ya ndere. Zabbuli ya Dawudi Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama; olowooze ku kunyolwa kwange. Wuliriza eddoboozi lyʼomulanga gwange, Ayi Kabaka wange era Katonda wange: kubanga ggwe gwe nsaba. Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange; buli nkya ndeeta gyʼoli okusaba kwange, ne nnindirira onziremu.
”Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga; kubanga abakunoonya tobaleka bokka.
”Omubi mu malala ge tanoonya Katonda.
”Okusaba kwa Dawudi Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira, wuliriza okukaaba kwange. Tega okutu owulirize okukoowoola kwange, kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
”Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ngʼonnyanukula; ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
”Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; ne nkaabirira Katonda wange annyambe. Yawulira eddoboozi lyange ngʼali mu yeekaalu ye; omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.
”Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna; kubanga ggwe Katonda, owʼobulokozi bwange era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
”Ekintu kimu kye nsaba Mukama, era ekyo kye nnoonya: okubeeranga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ezʼobulamu bwange, ne ndabanga obulungi bwa Mukama, era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
”Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola; onkwatirwe ekisa onnyanukule! Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.” Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
”Lindirira Mukama. Ddamu amaanyi, ogume omwoyo. Weewaawo, lindirira Mukama.
”Zabbuli ya Dawudi Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange, tolema kumpuliriza; kubanga bwʼonoonsiriikirira nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya. Owulire eddoboozi eryʼokwegayirira kwange, nga mpanise emikono gyange okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu, nga nkukaabirira okunnyamba.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange, leka nneme kuswazibwa. Ndokola mu butuukirivu bwo. Ontegere okutu kwo oyanguwe okunziruukirira. Beera ekiddukiro kyange ekyʼolwazi era ekigo ekyʼamaanyi ekyʼokumponya.
”Nanoonya Mukama, nʼannyanukula; nʼammalamu okutya kwonna. Abamwesiga banajjulanga essanyu, era tebaaswalenga. Omunaku ono yakoowoola Mukama nʼamwanukula, nʼamumalako ebyali bimuteganya byonna. Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama, nʼabawonya. Mulegeeko mulabe nga Mukama bwʼali omulungi! Balina omukisa abaddukira gyʼali.
”Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu, nʼamatu ge gawulira okukaaba kwabwe. Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi, okubasaanyizaawo ddala nʼobutaddayo kujjukirwa ku nsi. Abatuukirivu bakoowoola Mukama nʼabawulira nʼabawonya mu byonna ebiba bibateganya. Mukama abeera kumpi nʼabalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
”Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu, ne nkutenderezanga mu kibiina kyʼabantu abangi ennyo.
”Siriikirira awali Mukama, ogumiikirize ngʼolindirira kyʼanaakola. Tofangayo ngʼabalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.
”Ayi Mukama, wulira okusaba kwange, owulire okukaaba kwange onnyambe. Tonsiriikirira nga nkukaabirira. Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze, nga bajjajjange bonna bwe baali.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Nalindirira Mukama nʼobugumiikiriza, nʼantegera okutu, nʼawulira okukoowoola kwange,
”Ayi Mukama Katonda wange, otukoledde ebyʼewunyisa bingi. Ebintu byʼotuteekeddeteekedde tewali ayinza kubikutegeeza. Singa ngezaako okubittottola, sisobola kubimalayo byonna olwʼobungi bwabyo.
”Naye abo abakunoonya basanyuke era bajaguze; abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Mukama agulumizibwenga.” Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo. Mukama ondowoozeeko. Tolwawo, Ayi Katonda wange. Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.
”Mukama alaga okwagala kwe emisana nʼekiro ne muyimbira oluyimba lwe; yʼessaala eri Katonda wʼobulamu bwange.
”Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda. Nnaagulumizibwanga mu mawanga. Nnaagulumizibwanga mu nsi. Katonda owʼEggye ali naffe; Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
”Owangayo ssaddaaka eyʼokwebaza eri Katonda; era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo. Bwʼobanga mu buzibu, nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.
”Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange. Ompe amagezi munda ddala mu nze.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Nʼebivuga ebyʼenkoba. Zabbuli ya Dawudi Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda, togaya kwegayirira kwange.
”Naye nze nkoowoola Mukama Katonda, nʼandokola. Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu, ndaajana nga bwe nsinda; nʼawulira eddoboozi lyange.
”Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama, ajja kukuwanirira; kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
”Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu. Katonda wange anjagala anankulemberanga, ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga ebyʼenkoba. Zabbuli ya Dawudi Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda; wulira okusaba kwange. Nkukoowoola okuva ku nkomerero yʼensi, omutima gwange nga gugenda gunafuwa. Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
”Ya Mukulu wa Bayimbi, eri Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka; oyo obulokozi bwange mwe buva. Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange; ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga nʼakatono.
”Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka; kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange. Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange, ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga. Okulokolebwa kwange nʼekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka; ye lwe lwazi lwange olwʼamaanyi era kye kiddukiro kyange. Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu, mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe, kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.
”Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda. Ayi Katonda, oli Katonda wange, nkunoonya nʼomutima gwange gwonna; emmeeme yange ekwetaaga, omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira, nga nnina ennyonta ngʼali mu nsi enkalu omutali mazzi.
”Namukaabirira nʼakamwa kange, ne mutendereza nʼolulimi lwange. Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange, Mukama teyandimpulirizza; Ddala ddala Katonda yampuliriza era nʼawulira eddoboozi lyange nga nsaba. Katonda atenderezebwenga, atagobye kusaba kwange, wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!
”Ndajanye ne nkoowa, nʼemimiro ginkaze. Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye olwʼokutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
”Abaavu banaakirabanga ne basanyuka; mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
”Ya Mukulu wa Bayimbi ku ddoboozi “Tozikiriza.” Luyimba lwa Asafu Tukwebaza, Ayi Katonda. Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi. Abantu boogera ku bikolwa byo ebyʼekyewuunyo.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu Nnaakaabirira Katonda ambeere, ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire. Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama, ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa; emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.
”Nnaawulirizanga Mukama Katonda byʼagamba; asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe; naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
”Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama; owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo. Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga; kubanga ononnyanukulanga.
”Ya Mukulu wa Bayimbi, Zabbuli ya Batabani ba Koola. Ayi Mukama Katonda, Omulokozi wange, nkaaba emisana nʼekiro mu maaso go. Kkiriza okusaba kwange kutuuke gyʼoli; otege okutu kwo nga nkukoowoola.
”Naye nze, Ayi Mukama, naakabiriranga ggwe okunnyamba; buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga gyʼoli.
”Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe, tulyoke tubeere nʼomutima ogwʼamagezi.
”Obwesige bwʼoyo atya Katonda. Oyo abeera mu kifo ekyʼekyama ekyʼoyo Ali Waggulu Ennyo; aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
”Anankowoolanga ne muyitabanga; nnaabeeranga naye mu biseera ebyʼakabi. Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
”Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti Kirungi okwebazanga Mukama, nʼokuyimba ennyimba nʼokutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo; okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya, nʼokutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
”Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe. Kubanga ye Katonda waffe, naffe tuli bantu abʼomu ddundiro lye, era tuli ndiga ze zʼalabirira. Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba, ne ku lunaku luli e Maasa mu ddungu;
”Okusaba kwʼoyo ali mu buyinike nga baagala kumutta, nʼafukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama. Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, okkirize okukoowoola kwange kutuuke gyʼoli. Tonneekweka mu biseera ebyʼobuyinike bwange. Ntegera okutu kwo onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!
”Alyanukula okusaba kwʼabanaku; talinyooma kwegayirira kwabwe.
”Mumusuute, ngʼerinnya lye ettukuvu muligulumiza; emitima gyʼabo abanoonya Mukama gijjule essanyu. Munoonye Mukama nʼamaanyi ge; mumunoonyenga ennaku zonna.
”Amaviivi gange ganafuye olwʼokusiiba; omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
”Mukama mmwagala, kubanga awulidde eddoboozi lyange nʼokwegayirira kwange. Kubanga ateze okutu kwe gye ndi, kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu. Emiguwa gyʼokufa gyansiba, nʼokulumwa okwʼemagombe kwankwata; ne nzijula ennaku nnyingi nʼokutya. Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti, “Ayi Mukama, ndokola.”
”Ndiwaayo ekiweebwayo ekyʼokwebaza, ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
”Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama, nʼannyanukula, nʼagimponya.
”Nkwebaza kubanga onnyanukudde nʼofuuka obulokozi bwange.
”Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye, era abanoonya Mukama nʼomutima gwabwe gwonna.
”Nkunoonya nʼomutima gwange gwonna; tonzikiriza kuva ku mateeka go.
”Nkoowoola nʼomutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule! Nnaagonderanga amateeka go. Nkukaabirira, ondokole, nkwate ebiragiro byo. Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe; essuubi lyange liri mu kigambo kyo. Seebaka ekiro kyonna nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza. Olwʼokwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, ompe obulamu obuggya ngʼamateeka go bwe gali.
”Oluyimba nga balinnya amadaala Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo. Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange; otege amatu go eri eddoboozi lyʼokwegayirira kwange.
”Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira era essuubi lyange liri mu kigambo kye. Emmeeme yange erindirira Mukama; mmulindirira okusinga ngʼabakuumi bwe balindirira obudde okukya; okusingira ddala ngʼabakuumi bwe balindirira obudde okukya.
”Mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
”Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
”Mwebaze Mukama wʼabafuzi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
”Zabbuli Ya Dawudi Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi! Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola. Okusaba kwange kubeere ngʼebyakaloosa mu maaso go, nʼokugolola emikono gyange gyʼoli kubeere nga ssaddaaka eyʼakawungeezi.
”Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku. Nkaabirira Mukama nʼeddoboozi eryʼomwanguka; neegayirira Mukama ansaasire. Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa, ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
”Zabbuli Ya Dawudi Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, wulira okwegayirira kwange! Ggwe omwesigwa era omutuukirivu jjangu ombeere.
”Amaaso gʼabantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama, era bonna gwʼobawa ebyokulya mu biseera byabyo. Oyanjuluza engalo zo, ebiramu byonna nʼobigabira bye byetaaga ne bikkuta. Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna era ayagala byonna bye yatonda. Mukama abeera kumpi nʼabo bonna abamukoowoola; abo bonna abamukoowoola mu mazima. Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala, era awulira okukaaba kwabwe nʼabawonya.
”kale balinkoowoola, naye siriyitaba; balinnoonya obutaweera naye ne batandaba. Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, nʼokumanya, era ne bamalirira obutatya Mukama. Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange; ne banyooma okunenya kwange kwonna.
”Njagala abo abanjagala, nʼabo abanyiikira okunnoonya bandaba.
”Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama, nʼokusaba kwe tekukkirizibwa.
”Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo, wadde omutima gwo ogwanguyiriza, okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda. Katonda ali mu ggulu ngʼate ggwe oli ku nsi; kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
”Emyezi gyammwe Egibonese nʼembaga zammwe ezʼennaku entukuvu, emmeeme yange ebikyaye, binfuukidde omugugu, nkooye okubigumiikiriza. Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe nnaabakwekanga amaaso gange, era ne bwe munaasabanga ennyo siiwulirenga kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi. Munaabe, mwetukuze muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi, mulekeraawo okukola ebibi.
”Nange nnaalindirira Mukama Katonda akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo, mmunoonye nʼessuubi.
”Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro, omwoyo gwange gukunoonyeza ddala. Bwʼosalira ensi omusango, abantu bʼensi bayiga obutuukirivu.
”Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bwʼolimukaabira ngʼomusaba akuyambe. Amangwago ngʼawulidde, alikwanukula.
”Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira nʼebiwaawaatiro ngʼempungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.
”Munoonye Mukama nga bwʼakyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bwʼakyali okumpi.
”bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange eyʼokusabiramu. Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange. Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu eri amawanga gonna.”
”Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana? Olunaku omuntu lwʼeyetoowalizaako? Kukutamya bukutamya mutwe, kuguweta nga lumuli nʼokugalamira mu bibukutu mu vvu? Okwo kwe muyita okusiiba, olunaku olusiimibwa Mukama? Kuno kwe kusiiba kwe nalonda; okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu, nʼokuggyawo emiguwa gyʼekikoligo, nʼokuta abo abanyigirizibwa, nʼokumenya buli kikoligo?
”Naye obutali butuukirivu bwammwe bwe bubaawudde ku Katonda wammwe. Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge, nʼatawulira.
”Mukama nʼalyoka agamba nti, “Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya. Neeraga abo abaali tebannoonya. Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ngʼaŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’
”Nga tebanakoowoola ndibaddamu, nga bakyayogera bati mbaddemu.
”Noolwekyo, bwʼatyo bwʼayogera Mukama nti, ‘Laba, ndibaleetako akabi ke batayinza kuwona; wadde banaankaabirira, sijja kubawuliriza. Ebibuga bya Yuda nʼabantu ba Yerusaalemi bajja kugenda bakaabirire bakatonda baabwe be bootereza obubaane, naye tebaabayambe nʼakamu nga bali mu nnaku.
”Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ezʼokubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ezʼokubawa essuubi era nʼobulamu obwʼomu maaso,” bwʼayogera Mukama. “Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira,” bwʼayogera Mukama. “Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya nʼomutima gwammwe gwonna. Mulinzuula era ndibakomyawo okubaggya mu buwaŋŋanguse. Ndibakuŋŋaanya mu mawanga gonna nʼebifo byonna, gye nabagobera, era ndibakomyawo mu kifo mwe nabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse,” bwʼayogera Mukama.
”‘Mumpite nʼabayitaba ne mbalaga ebikulu ebitanoonyezeka bye mutamanyi.’
”Kale laga mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olwʼokusiiba osomere abantu ebigambo bya Mukama ebiri ku muzingo byʼowandiise nga njogera. Bisomere abantu ba Yuda bonna abava mu bibuga byabwe. Oboolyawo banaaleeta okwegayirira kwabwe eri Mukama, era buli omu anaava mu makubo ge amabi, kubanga obusungu nʼekiruyi Mukama byʼagambye okutuusa ku bantu bano binene nnyo.”
”“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,” bwʼayogera Mukama, “abantu ba Isirayiri awamu nʼabantu ba Yuda balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe. Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti, Mujje twesibe ku Mukama Katonda mu ndagaano eyʼemirembe gyonna etegenda kwerabirwa.”
”Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi, eri oyo amunoonya. Kirungi omuntu okulindirira obulokozi bwa Mukama nʼobukkakkamu.
”Tuyimuse emitima gyaffe nʼemikono gyaffe eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
”Nʼaŋŋamba nti, “Ebyo obirabye, omwana wʼomuntu? Oliraba ebyʼekivve ebisinga nʼebyo.” Awo nʼantwala mu luggya olwʼomunda olwʼennyumba ya Mukama, awo ku mulyango gwa yeekaalu ya Mukama wakati wʼekisasi nʼekyoto, nga waliwo abasajja ngʼamakumi abiri mu bataano, nga bakubye amabega eyeekaalu ya Mukama, nga batunudde Ebuvanjuba, ne bagwa bugazi nga basinza enjuba nga batunudde Ebuvanjuba. Nʼambuuza nti, “Ebyo obirabye, omwana wʼomuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola ebintu ebyʼekivve bye baakola wano? Kibagwanira okujjuza ensi nʼebikolwa ebyʼobukambwe ne bongeranga okunyiiza? Laba basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe! Kyendiva mbabonereza nʼobusungu; siribakwatirwa kisa newaakubadde okubasonyiwa, era ne bwe balindekaanira siribawuliriza.”
”Ategeera ebiseera nʼebiro; assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka; awa amagezi abagezigezi, era nʼokumanyisa abo abategeevu. Abikkula ebyama ebyakisibwa edda; amanyi ebifa mu nzikiza, nʼekitangaala kibeera naye. Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange ompadde amagezi nʼamaanyi, ombikkulidde ekyo kye twakusabye, otutegeezezza ekirooto kya kabaka.”
”Abakungu bonna, nʼabamyuka baabwe, nʼabaamasaza, nʼabawi bʼamagezi abʼoku ntikko, nʼabakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, nʼokuwa ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga eri katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu ezinaddirira, okuggyako ngʼasinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku yʼempologoma. Kaakano ayi kabaka teeka etteeka era liwandiikibwe, ngʼamateeka gʼAbameedi nʼAbaperusi agatajjulukuka bwe gali, kireme okukyusibwa.” Awo kabaka Daliyo nʼakola etteeka nʼalissaako nʼomukono gwe.
”Awo Danyeri bwe yamanya ngʼetteeka liwandiikiddwa, nʼagenda ewuwe mu nnyumba ye, nʼayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, nʼafukamiranga emirundi esatu olunaku, nʼasabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo. Awo abasajja bali ne bateekateeka okugenda ngʼekibiina ne basanga Danyeri ngʼasaba era nga yeegayirira Katonda we. Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ngʼasinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku yʼempologoma?” Kabaka nʼaddamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ngʼamateeka gʼAbameedi nʼAbaperusi bwe gali agatajjulukuka.” Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka lyʼowandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.”
”Awo ne nkyukira Mukama Katonda ne nnoonya okubeerwa okuva gyali nga nsaba era nga neegayirira, nga nsiiba era nga nyambadde ebibukutu nga neesiize evvu. Ne nsaba Mukama Katonda wange ne mwatulira nti, “Ayi Mukama Katonda omukulu era owʼentiisa, akuuma endagaano ye so nʼokwagala kwo tekujjulukuka eri abo bonna abakwagala era abagondera ebiragiro byo, twonoonye era tusobezza, tukoze ebyʼekyejo nʼebyʼobujeemu, era
”“Kaakano, Ayi Katonda waffe, owulire okusaba nʼokwegayirira kwʼomuddu wo, olwʼokusaasira kwo Ayi Mukama otunule eri ekifo kyo ekitukuvu. Ayi Katonda wange, otege okutu kwo owulirize, otunuulire okuzika kwʼekibuga ekyatuumibwa erinnya lyo, kubanga tetuleeta byetaago byaffe eri ggwe olwʼobutuukirivu bwaffe, wabula olwʼokusaasira kwo okungi. Ayi Mukama otuwulire! Ayi Mukama, otusonyiwe! Ayi Mukama otuwulire era obeeko ne kyʼokolawo! Olwʼokusaasira kwo, Ayi Katonda wange oleme okulwa, kubanga ekibuga kyo nʼabantu bo nʼeggwanga lyo bayitibwa Erinnya lyo.”
”Awo bwe nnali nga njogera era nga nsaba, nga njatula ebibi byange nʼebibi byʼabantu bange Isirayiri, nga neegayirira Mukama Katonda wange ku lwʼolusozi lwe olutukuvu, awo mu kiseera ekyo nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri, gwe nalaba mu kwolesebwa okwasooka, nʼajja gye ndi mu mbuyaga eyʼamaanyi mu kiseera ekya ssaddaaka eyʼakawungeezi. Nʼaŋŋamba nti, “Danyeri, kaakano nzize okukuwa amagezi nʼokutegeera. Amangu nga waakatandika okusaba, okwegayirirakwo kwaddibwamu era nzize okukutegeeza, kubanga oli mwagalwa nnyo. Noolwekyo ssaayo omwoyo eri ekigambo kino, otegeere bye wayolesebwa.
”Mu biro ebyo, nze Danyeri ne mmala wiiki ssatu nga nkungubaga. Saalya ku mmere ennungi, newaakubadde ennyama wadde okunywa ku wayini; era ne nsiwuukira ddala okumala wiiki ssatu.
”Ne wabaawo omukono ogunkwatako, emikono gyange nʼamaviivi gange ne bitanula okujugumira. Nʼaŋŋamba nti, “Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera era osseeyo omwoyo ku bigambo bye njogera naawe, era yimuka oyimirire kubanga ntumiddwa gyʼoli.” Awo bwe yayogera ebigambo ebyo gye ndi ne nnyimirira nga nkankana. Nʼalyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olwʼebigambo byo. Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana nʼomulangira wʼe Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu nʼajja nʼannyamba, kubanga kabaka wʼe Buperusi yali ankwatidde eyo. Kaakano nzize okukunnyonnyola ebigenda okutuuka ku bantu bo mu biro ebyʼomu maaso; kubanga bye wayolesebwa byogera ku biro ebigenda okujja.” Awo bwe yali ngʼakyambuulira ebyo, ne nkutama, ne ntunuza amaaso gange wansi, ne nsirika.
”Ndiddayo mu kifo kyange, okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe. Balinnoonya, mu buyinike bwabwe, balinnoonya nʼomutima gwabwe gwonna.”
”Mulangirire okusiiba okutukuvu nʼokukuŋŋaana mu maaso ga Katonda. Muyite abakulu abakulembeze nʼabantu bonna ababeera mu nsi, bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe bamukaabirire.
”Mukama kyava agamba nti, “Mukomeewo gye ndi nʼomutima gwammwe gwonna. Mukomeewo nʼokusiiba nʼokukaaba awamu nʼokukungubaga.” “Muyuze emitima gyammwe so si byambalo byammwe. Mudde eri Mukama Katonda wammwe, kubanga ajjudde ekisa nʼokusaasira, era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo; nʼabandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
”Awo Yona nʼasinziira mu kyennyanja nʼasaba Mukama Katonda we, ngʼagamba nti, “Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama nʼanziramu; mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola, era nʼowulira eddoboozi lyange!
”Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ngʼezirika ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda. Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka mu yeekaalu yo entukuvu.
”Abantu bʼomu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi. Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka wʼe Nineeve, nʼayimuka ku ntebe ye eyʼobwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, nʼatuula mu nfuufu. Kabaka teyakoma awo, wabula nʼayisa nʼetteeka nʼalibunya Nineeve yonna nga ligamba nti, Olwʼekiragiro kya kabaka nʼabakungu be: “Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana nʼekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi; naye buli muntu nʼekisibo bibikkibwe nʼebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona nʼokukola ebyʼobukambwe. Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira nʼakkakkanya obusungu bwe nʼatatuzikiriza.” Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka nʼebibi byabwe, nʼabasonyiwa nʼatabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.
”Balikoowoola Mukama, naye talibaanukula. Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge olwʼebibi bye bakoze.
”Naye nze nnindirira Mukama nga nnina essuubi, nnindirira Katonda Omulokozi wange; Katonda wange anampulira.
”Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu abʼomu nsi, abakola byʼalagira; munoonye obutuukirivu nʼobuwombeefu; mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olwʼobusungu bwe.
”“Gamba abantu bonna abali mu nsi, ne bakabona nti, ‘Bwe mwasiiba ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gwʼomusanvu mu myaka gino ensanvu, mwali musiibira nze?
”era abʼekibuga ekimu baliraga mu kibuga ekirala babagambe nti, ‘Tugende mangu twegayiririre Mukama, tunoonye amaaso ga Mukama owʼEggye. Nze kennyini ŋŋenda.’ Abantu bangi nʼamawanga mangi agʼamaanyi galijja okunoonya Mukama owʼEggye mu Yerusaalemi nʼokwegayirira Mukama.”
”Ekitundu kino ekyʼekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro, ne mbalongoosa ngʼeffeeza bwʼerongoosebwa mbagezese nga zaabu bwʼegezesebwa. Balikoowoola erinnya lyange nange ndibaanukula. Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’ era nabo baliddamu nti, ‘Mukama ye Katonda waffe.’ ”
”Nʼamala ennaku amakumi ana ngʼasiiba, nga talya, emisana nʼekiro, oluvannyuma enjala nʼemuluma.
”Naye nze mbagamba nti, Mwagalenga abalabe bammwe! Musabirenga ababayigganya!
”“Era bwe mubanga musaba mwekuume obutaba nga bannanfuusi abaagala okweraga nga bwe bali bannaddiini, ne basabira mu makuŋŋaaniro ne ku nguudo mu lujjudde, abantu babalabe. Abo, eyo yʼempeera yokka gye balifuna. Naye ggwe bwʼobanga osaba, oyingiranga mu nnyumba yo, ne weggalira mu kisenge kyo nʼosabira eyo mu kyama. Kitaawo ategeera ebyama byo byonna alikuwa byʼomusabye. Era bwe musabanga temuddiŋŋananga mu bigambo oba okwogera ebigambo enkumu ngʼabatamanyi Katonda bwe bakola nga balowooza nti Bwe banaddiŋŋana mu bigambo emirundi nʼemirundi okusaba kwabwe lwe kunaddibwamu. Kale temubafaanananga, kubanga Kitammwe amanyidde ddala byonna bye mwetaaga ne bwe muba nga temunnamusaba.”
”Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti, Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya Lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. Byʼoyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu. Tuwe emmere yaffe eya leero. Tusonyiwe ebyonoono byaffe nga naffe bwe tusonyiwa abatwonoona. Totuganya kukemebwa naye tulokole eri omubi.
”“Bwe musiibanga, temukiraganga nga bannanfuusi bwe bakola. Kubanga batunuza ennaku balyoke balabike mu bantu nti basiiba, mbategeeza ngʼabo, eyo yʼempeera yokka gye bagenda okufuna. Naye ggwe bwʼosiibanga olongoosanga enviiri zo nʼonaaba ne mu maaso abantu baleme kutegeera nti osiiba, okuggyako Kitaawo ali mu ggulu era alaba mu kyama alikuwa empeera.”
”Noolwekyo temweraliikiririranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki? Oba nti, Tunaanywa ki? Oba nti, Tunaayambala ki?’ Ebyo byonna Bannamawanga bye bayaayaanira. Naye Kitammwe ali mu ggulu amanyi ngʼebyo byonna mubyetaaga. Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda nʼobutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako.
”“Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo. Kubanga buli asaba aweebwa, na buli anoonya azuula, na buli akonkona aggulirwawo.” “Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja? Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota? Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?
”Lwali lumu abayigirizwa ba Yokaana ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebasiiba nga ffe nʼAbafalisaayo bwe tukola?” Yesu nʼababuuza nti, “Mikwano gyʼomugole bayinza okunakuwala ngʼomugole akyali nabo? Naye ekiseera kirituuka omugole lwalibaggibwako. Olwo nno balisiiba.
”Yesu nʼasaba bwʼati nti, “Ayi Kitange, Mukama wʼeggulu nʼensi, nkwebaza kubanga ebigambo byo bino ebyʼamazima wabikisa abo abeeyita abʼamagezi ennyo, naye nʼobibikkulira abaana abato.
”Bwe yamala okusiibula ekibiina nʼayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ngʼali eyo yekka.
”“Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”
”Yesu nʼabaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwʼoba nʼokukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino nʼebisingawo. Oyinza nʼokulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo. Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”
”Bwʼatyo nʼasitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, nʼabawa ngʼagamba nti, “Munywe ku kino mwenna,
”Awo Yesu nʼagenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane nʼabagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.” Nʼatwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, nʼatandika, okuwulira ennaku nnyingi nʼokweraliikirira ennyo. Nʼabagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.” Nʼabaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, nʼagwa wansi ngʼavuunise amaaso ge ku ttaka, nʼasaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bwʼoyagala.” Nʼaddayo eri abayigirizwa be nʼabasanga nga beebase. Nʼagamba Peetero nti, “Peetero, naawe tosobodde kutunula nange nʼessaawa emu? Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!” Nʼabavaako omulundi ogwokubiri akabanga nʼagenda nʼasaba ngʼagamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale kyʼoyagala kye kiba kikolebwa.”
”Era laba! Eggigi lyʼomu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi nʼekankana, nʼenjazi ne zaatika.
”Enkeera ngʼobudde tebunnalaba yesu nʼazuukuka nʼagenda yekka mu kifo ekyekusifu, okusaba.
”Abayigirizwa ba Yokaana nʼabʼAbafalisaayo baali basiiba. Abantu ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa ba Yokaana nʼabayigirizwa bʼabafalisaayo basiiba, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?” Awo Yesu nʼabaddamu nti, “Ddala ddala abali nʼawasiza omugole bayinza batya okusiiba, ngʼawasizza omugole ali nabo? Naye ekiseera kirituuka awasizza omugole bwʼalibaggibwako; okuva olwo ne balyoka basiiba.
”Bwe yamala okubasiibula nʼalinnya ku lusozi okusaba.
”Yesu nʼamuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.” Amangwago Kitaawe wʼomwana nʼayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!”
”Nʼaddamu nti, “Ogwʼengeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba.”
”Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, ‘Situka ogwe mu nnyanja,’ nʼatabuusabuusa mu mutima gwe, naye nʼaba nʼokukkiriza, kyʼayogedde kirituukirira. Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli.
”Bwe mubanga mugenda okusaba musonyiwenga omuntu yenna gwe mulinako ensonga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ebyonoono byammwe. Naye bwe mutaasonyiwenga, ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa byonoono byammwe.”
”Awo Yesu nʼabayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, nʼagamba abayigirizwa be nti, “Mugira mutuula wano, ŋŋende nsabe.” Nʼatwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana; nʼatandika okweraliikirira nʼokuteganyizibwa mu mutima. Nʼabagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi nnyo zaagala na kunzita, kale mubeere wano mukuume.” Ne yeeyongerako mu maaso katono, nʼagwa wansi nʼasaba obanga kisoboka, essaawa eyo, ereme kutuuka. Nʼasaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gyʼoli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bwʼoyagala.” Nʼakomawo gye bali, nʼabasanga nga beebase. Nʼagamba Peetero nti, “Simooni! Weebase? Tosobodde kutunulako nange wadde essaawa emu? Mutunule musabe, muleme kukemebwa. Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”
”Eggigi eryʼomu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuviira ddala waggulu okutuuka wansi.
”Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.”
”nʼasigala nga nnamwandu. Mu kiseera kino yali yaakamala emyaka kinaana mu ena, era teyavanga mu Yeekaalu ngʼasiiba nʼokwegayiriranga Katonda emisana nʼekiro. Awo Ana mu kiseera ekyo yali ayimiridde okumpi ne Maliyamu ne Yusufu, naye nʼatandika okutendereza Katonda ngʼamwogerako eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.
”Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu nʼabatizibwa. Yesu nʼasaba, eggulu ne libikkuka,
”nʼakemebwa Setaani okumala ennaku amakumi ana. Ebbanga eryo lyonna yalimala nga talidde ku mmere, bwe lyaggwaako enjala nʼemuluma.
”Naye bwe yasalangawo akabanga, ne yeeyawula nʼalagako mu bifo eteri bantu, okusaba.
”Kyokka ne bamugamba nti, “Abayigirizwa ba Yokaana batera okusiiba nʼokusaba. Nʼabayigirizwa bʼAbafalisaayo nabo bwe batyo. Naye ababo balya ne banywa.” Naye Yesu nʼabagamba nti, “Abagenyi bayinza okusiiba ngʼawasizza omugole akyali nabo? Naye ekiseera kijja, awasizza omugole ngʼabaggiddwako olwo ne balyoka basiiba.”
”Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu nʼalinnya waggulu ku lusozi okusaba, nʼasaba ekiro kyonna eri Katonda.
”“Naye mmwe abampuliriza mbagamba nti Mwagalenga abalabe bammwe, nʼababakyawa mubayisenga bulungi. Ababakolimira mubasabirenga omukisa; ababayisa obubi mubasabirenga.”
”Awo nga wayiseewo ngʼennaku munaana, Yesu nʼatwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne bambuka ku lusozi okusaba. Bwe yali ngʼasaba endabika yʼamaaso ge nʼekyusibwa, ebyambalo bye ne byeruka ne bitukula nnyo era ne byakaayakana.
”Awo olwatuuka Yesu ngʼali mu kifo ekimu ngʼasaba, bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be nʼamugamba nti, “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusaba nga Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.” Nʼabagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti, ‘Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe, obwakabaka bwo bujje. Otuwenga buli lunaku emmere yaffe eyʼolunaku. Era otusonyiwe ebyonoono byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatukolako ebisobyo. So totutwala mu kukemebwa.’ ”
”Ate nʼabagamba nti, “Singa omu ku mmwe alina mukwano gwe, nʼajja gyʼali ekiro mu ttumbi nʼamugamba nti, ‘Mukwano gwange, nkusaba ompoleyo emigaati esatu, kubanga nfunye omugenyi, mukwano gwange avudde lugendo, naye sirina kyakulya kya kumuwa.’ ” “Oli ali munda mu nju bwʼayanukula nti, ‘Tonteganya. Twasibyewo dda, ffenna nʼabaana bange twebisse. Noolwekyo siyinza kugolokoka kaakano ne mbaako kye nkuwa.’ Naye mbategeeza nti, Newaakubadde nga tagolokoka nʼamuyamba nga mukwano gwe, naye, singa akonkona nʼamwetayirira, alwaddaaki agolokoka nʼamuwa byʼamusabye.
”“Bwe ntyo mbagamba nti, musabe munaaweebwa, munoonye mulizuula, mukonkone era munaggulirwawo. Kubanga buli asaba, aweebwa, nʼoyo anoonya, azuula, era nʼakonkona aggulirwawo. “Ani ku mmwe kitaawe wʼomwana, omwana we ngʼamusabye ekyennyanja, mu kifo kyʼekyennyanja nʼamuwa omusota? Oba ngʼamusabye eggi nʼamuwa enjaba? Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”
”Mube ngʼabasajja abalindirira mukama waabwe; bwʼakomawo okuva mu mbaga yʼobugole, nʼakonkona banguwa okumuggulirawo oluggi. Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe baalisanga nga batunula. Ddala ddala mbagamba nti, agenda kwambala atuuze abaddu abo ku mmeeza abagabule.
”Awo Yesu nʼagerera abayigirizwa be olugero ngʼagamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba nʼobutaggwaamu mwoyo, ngʼagamba nti, “Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, nga tatya Katonda era nga tafa ku muntu yenna. Mu kibuga ekyo mwalimu nnamwandu eyajjanga ewʼomulamuzi oyo buli lunaku ngʼamwegayirira nti, ‘Nnamula nʼomulabe wange.’ “Omulamuzi nʼamala ebbanga ngʼakyagaanyi. Naye oluvannyuma nʼagamba mu mutima gwe nti, ‘Newaakubadde nga sitya Katonda era nga sirina muntu gwe nzisaamu kitiibwa, naye olwokubanga nnamwandu ono aneetayiridde nnyo, nzijja kumumalira ensonga ze, kubanga ajja kunkooya olwʼokuneetayirira ngʼajja gye ndi buli lunaku!’ ” Awo Mukama waffe nʼagamba nti, “Muwulire omulamuzi atali wa mazima bwʼagamba. Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana nʼekiro ate ngʼabagumiikiriza? Mbagamba nti Agenda kubalamula mangu. Naye Omwana wʼOmuntu, bwʼalijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”
”“Abantu babiri baayambuka mu Yeekaalu okusaba, omu yali Mufalisaayo nʼomulala nga muwooza. Omufalisaayo nʼayimirira nʼatandika okusaba nga yeeyogerako nti, ‘Nkwebaza, Katonda, kubanga sifaanana ngʼabantu abalala: abʼomululu, abalyazaamaanyi, abenzi, oba omuwooza ono. Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, era mpaayo eri Katonda, ekimu ekyʼekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’ “Naye omuwooza nʼayimirira wala nʼatasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ngʼasaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ngʼasaba nti ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’ “Mbagamba nti Omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ngʼasonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, nʼoyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
”Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana wʼOmuntu bwʼalijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”
”naye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bwʼolimala okwenenya, yamba mu kuzimba nʼokunyweza okukkiriza kwa baganda bo.”
”Bwe yatuuka eyo nʼagamba abayigirizwa be nti, “Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa.” Ye nʼabavaako akabanga ngʼawakasukwa ejjinja, nʼafukamira nʼasaba nti, “Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula kyʼoyagala kye kiba kikolebwa.” Awo malayika eyava mu ggulu nʼajja nʼamugumya. Yali mu kunyolwa kunene nnyo okwʼomwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo nʼatuuyana nʼentuuyo ezamuvaamu ne ziba ngʼamatondo gʼomusaayi, era ne gatonnya wansi. Bwe yayimuka ngʼamaze okusaba nʼaddayo eri abayigirizwa be, naye nʼabasanga nga beebase, olwʼennaku eyali ebakutte. Nʼabagamba nti, “Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, okukemebwa kuleme okubawangula.”
”Yesu nʼagamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
”kubanga enjuba yalekeraawo okwaka. Amangwago eggigi lyʼomu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri.
”Awo Yesu nʼatoola emigaati ne yeebaza Katonda, nʼagabula abantu abatudde. Nʼebyennyanja nʼakola bwʼatyo. Bonna ne balya ne bakkuta.
”Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”
”Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola byʼayagala.
”Era oyo omuggazi amuggulirawo, nʼendiga ziwulira eddoboozi lye, aziyita amannya gaazo nʼazifulumya ebweru. Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye.
”Nnina nʼendiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba nʼomusumba omu.
”Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera.
”Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu nʼatunula waggulu nʼagamba nti, “Kitange nkwebaza olwʼokumpulira. Mmanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde olwʼabantu bano abayimiridde wano, balyoke bakkirize nti Ggwe wantuma.” Bwe yamala okwogera bwʼatyo, nʼakoowoola mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Laazaalo fuluma.”
”Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.” “Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange, nange ndisaba Kitange nʼabawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe nʼemirembe, Mwoyo owʼAmazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe.
”Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gwʼalituma mu linnya lyange, bwʼalijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.
”Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.
”“Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala ebyʼolubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga.
”Naye Omwoyo owʼamazima, bwʼalijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo byʼawulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo.
”Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange. Kino mubadde temukikola, naye kaakano mukitandike. Musabe mu linnya lyange, mujja kuweebwa ekyo kye musaba, essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
”Yesu bwe yamala okwogera ebyo nʼayimusa amaaso ge nʼatunula eri eggulu, nʼayogera nti, “Kitange ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, nʼomwana alyoke akugulumize, nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu owʼamazima, nʼoyo gwe watuma, Yesu Kristo. Nkugulumizizza ku nsi, omulimu gwe wantuma okukola, ngumalirizza. Kale kaakano, Kitange, ngulumiza wamu naawe mu kitiibwa ekyo kye nnali nakyo ngʼensi tennabeerawo.” “Njolesezza erinnya lyo eri abantu be wampa okuva mu nsi. Baali ba nsi naye nʼobampa. Baali babo nʼobampa era bakkirizza ekigambo kyo. Bategedde nga buli kye nnina kiva gyʼoli, kubanga buli kye wandagira nkibayigirizza ne bakitegeera era bategeeredde ddala nga nava gyʼoli, era ne bakkiriza nga ggwe wantuma. Mbasabira. Sisabira nsi, naye nsabira abo be wampa kubanga babo. Ngʼebintu byonna bwe biri ebyange ate era nga bibyo, era ne bibyo nga byange, bampeesa ekitiibwa. Nze sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi, ate nga nzija gyʼoli. Kitange Omutukuvu, be wampa bakuume mu linnya lyo, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. Bwe mbadde nabo, abo be wampa mbakuumye mu linnya lyo, ne watabaawo azikirira, okuggyako omwana owʼokubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.” “Nange kaakano nzija gyʼoli, era mbabuulidde ebintu bino nabo babe nʼessanyu lyange nga lituukiridde mu bo. Mbawadde ekigambo kyo, ensi nʼebakyawa kubanga si ba nsi nga Nze bwe siri wa nsi. Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume eri omubi. Si ba nsi nga nange bwe siri wa nsi. Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima. Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe ntyo mbatuma mu nsi. Era neetukuza ku lwabwe nabo balyoke batukuzibwe mu mazima.” “Sisabira bano bokka naye nsabira nʼabo abanzikiriza olwʼekigambo kyabwe, bonna babeere bumu, nga ggwe Kitange bwʼoli mu Nze, nange nga ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma. Mbawadde ekitiibwa kye wampa, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. Nze nga ndi mu bo, era naawe ngʼoli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti Obaagala nga bwʼonjagala.” “Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ngʼensi tennatondebwa. Ayi Kitange Omutukuvu, ensi teyakumanya, kyokka Nze nkumanyi era nʼabayigirizwa bano bamanyi nga ggwe wantuma. Era mbayigirizza ne bamanya erinnya lyo, era nzija kwongera okubamanyisa okwagala kwo kwʼonjagala, kulyoke kubeerenga mu bo, era nange mbeere mu bo.”
”Abo bonna ne beeweerayo ddala nʼomutima gumu okusaba wamu nʼabakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.
”Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu. Amangwago okuwuuma, nga kuli ngʼempewo eyʼamaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde. Ku buli omu ne kutuulako ennimi ngʼezʼomuliro. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ezʼenjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.
”Bonna bwe baabiwulira ne bayimusiza wamu amaloboozi gaabwe nʼomwoyo gumu eri Katonda ne basaba nti, “Ayi Mukama, Omutonzi wʼeggulu nʼensi nʼennyanja ne byonna ebibirimu,
”Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda nʼobuvumu.
”Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu,
”Awo Koluneeriyo nʼaddamu nti, “Ennaku nnya eziyise, nnali mu nnyumba yange nga nsaba mu ssaawa nga bwe ziti omwenda ezʼolweggulo. Amangwago omusajja nʼayimirira mu maaso gange ngʼayambadde engoye ezitemagana. Nʼaŋŋamba nti, ‘Koluneeriyo, Katonda awulidde okusaba kwo, era ajjukidde ebirabo byo byʼogabira abaavu.
”Peetero nʼakuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa nʼenyiikira nnyo okumusabira eri Katonda. Ekiro ekyo, ngʼenkeera Kerode ategese okuwaayo Peetero, Peetero yali yeebase wakati wʼabaserikale babiri, ngʼasibiddwa nʼenjegere bbiri, nga ne ku mulyango gwʼekkomera kuliko abakuumi. Laba malayika wa Mukama nʼayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika nʼakuba ku Peetero mu mbiriizi nʼamuzuukusa ngʼamugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi.
”Awo bwe baamala okusaba nʼokusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.
”Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza.
”Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba nʼennyimba ezʼokutendereza Katonda, nga nʼabasibe abalala bawuliriza, amangwago ne wabaawo musisi owʼamaanyi ennyo. Emisingi gyʼekkomera ne ginyeenyezebwa, nʼenzigi zʼekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era nʼenjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri!
”Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutukuvu nʼabakkako, ne batandika okwogera ennimi endala era nʼokuwa obunnabbi.
”Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, nʼafukamira nʼasaba nabo bonna.
”Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bwʼoyatudde erinnya lye.’
”Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, nʼaddira omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso gaabwe bonna, nʼamenya omugaati nʼalya.
”NʼOmwoyo bwʼatyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra nʼokusinda okutayogerekeka. Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo kyʼalowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ngʼokusiima kwa Katonda bwe kuli.
”Abooluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsabira Abayisirayiri eri Katonda, kwe kulokolebwa.
”nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba.
”Akuza olunaku aba alukuza eri Mukama. Oyo alya aba alya ku bwa Mukama, kubanga aba agulumiza Katonda. Nʼoyo atalya aba talya ku bwa Mukama, era aba agulumiza Katonda.
”Kaakano mbakuutira abooluganda, mu Mukama waffe Yesu Kristo ne mu kwagala kwʼOmwoyo, okufubiranga awamu nange, nga munsabira eri Katonda,
”Kubanga ayogera mu nnimi tayogera nʼabantu, wabula ayogera na Katonda. Kubanga tewali nʼomu ategeera byʼagamba. Aba ayogera bya kyama mu Mwoyo.
”Ayogera ennimi yeezimba yekka, naye oyo ayogera ebyʼobunnabbi azimba ekibiina kyonna ekyʼabakkiriza.
”Kale buli ayogera mu lulimi asabe Katonda amusobozese okuluvvuunula. Kubanga bwe nsaba Katonda mu lulimi lwe sitegeera, omwoyo gwange gusaba, naye sibaako kye nganyulwa. Kale kino ki? Nnaasinzanga Katonda nʼomwoyo gwange awamu nʼamagezi gange era nnaayimbanga mu mwoyo gwange awamu nʼamagezi gange. Kubanga bwʼotendereza Katonda mu mwoyo gwo, omuntu atategeera kyʼogamba ayinza atya okuddamu nti, “Amiina!” ngʼomaliriza okwebaza, ngʼebigambo ebyebazizza tabitegedde? Weewaawo oyinza okuba nga weebazizza Katonda, naye omulala nga tagasibbwa. Neebaza Katonda kubanga njogera ennimi okubasinga mwenna. Naye mu lukuŋŋaana njagala njogere nʼamagezi gange ebigambo bitaano abalala bye bategeera nga mbayigiriza, okusinga okwogera ebigambo omutwalo mu nnimi, bye bataategeere.
”Noolwekyo ennimi kyeziva ziba akabonero, si eri abo abakkiriza naye eri abo abatali bakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kwʼabo abakkiriza so si abo abatali bakkiriza. Kale singa Ekkanisa ekuŋŋaana bonna ne boogera mu nnimi abatamanyi oba abatali bakkiriza ne bayingira, tebagamba nti Mulaluse? Naye singa bonna boogera ebyʼobunnabbi, atali mukkiriza oba atamanyi nʼayingira, ebyo ebyogerebwa byonna, bijja kumuleetera okulumirizibwa olwʼebibi bye, yeesalire omusango, ebyama byʼomu mutima gwe bibikkulwe, alyoke afukamire asinze Katonda, nga bwʼagamba nti, “Ddala Katonda ali mu mmwe.”
”Singa wabaawo aboogera mu nnimi bandyogedde babiri, oba obutasussa basatu, era nga boogera mu mpalo, ate wabeewo nʼavvuunula. Naye bwe watabaawo avvuunula omwogezi wʼennimi asirike busirisi mu Kkanisa wabula ayogerere munda ye ne Katonda.
”Kale baganda bange muyaayaanirenga okwogera ebyʼobunnabbi, kyokka okwogera mu nnimi temukuziyiza.
”sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe owʼekitiibwa, abawe Omwoyo owʼamagezi nʼokubikkulirwa mweyongere okumutegeera.
”Ku bwʼoyo Kristo ffenna tuyita mu Mwoyo omu okutuuka eri Kitaffe.
”Kaakano nsaba nti Oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ngʼamaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe, agulumizibwenga mu Kkanisa ne mu Kristo Yesu, emirembe nʼemirembe. Amiina.
”Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ezʼOmwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
”nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.
”Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, era buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu.
”Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi nʼokutegeera, mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo, nga mujjudde ekibala ekyʼobutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olwʼokuweesa Katonda ekitiibwa nʼokumutendereza.
”Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu nʼokwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. Nʼemirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe nʼemitima gyammwe mu Kristo Yesu.
”Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi. Kyokka mukola bulungi okulumirirwa awamu nange mu kubonaabona kwange.
”Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ngʼobugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.
”Buli bwe tubasabira, twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.
”Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda byʼayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okwʼomwoyo.
”Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, nʼokutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa.
”Epafula owʼewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda byʼayagala, abalamusizza.
”Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna era tubasabira obutayosa,
”Musanyukenga ennaku zonna. Musabenga obutayosa. Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda kyʼabaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu.
”Abooluganda, naffe, mutusabirenga.
”Abooluganda, ekyʼenkomerero, mutusabirenga, ekigambo kya Mukama kibune mangu era Mukama agulumizibwenga, nga bwʼagulumizibwa mu mmwe,
”Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lwʼabantu bonna. Era musabirenga bakabaka nʼabafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri.
”Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.
”Kubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza, kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda, nʼokukisabira.
”Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, essuubi lye aba alitadde mu Katonda, era anyiikire okwegayirira nʼokusaba Katonda emisana nʼekiro.
”Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana nʼekiro.
”Bulijjo bwe mba nga nkusabira neebaza Katonda,
”Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ezʼenjawulo ngʼayita mu bannabbi; naye mu nnaku zino ezʼoluvannyuma yayogera naffe ngʼayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi nʼebintu byonna ebirimu.
”Kyogerwako nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye temukakanyaza mitima gyammwe nga bali bwe baajeema.”
”Katonda kyeyava ateekateeka nate olunaku, nʼalutuuma leero, bwe yayogerera mu Dawudi, oluvannyuma lwʼekiseera ekiwanvu nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe.
”Kale tusembererenga entebe ya Katonda eyʼobwakabaka eyʼekisa nʼobuvumu, tufune okusaasirwa nʼekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.
”Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogwʼobuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bwʼakaaba amaziga mu ddoboozi eryʼomwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda nʼawulira okusaba kwe. Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona.
”Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu wʼAwatukuvu olwʼomusaayi gwa Yesu,
”Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era nʼabo abamunoonya nʼobwesigwa abawa empeera.
”Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka eyʼokutendereza Katonda, kye kirabo ekyʼemimwa, nga twatula erinnya lye.
”Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa. Kyokka amusabenga mu kukkiriza, nga tabuusabuusa, kubanga oyo abuusabuusa ali ngʼejjengo eryʼoku nnyanja erisundibwa empewo.
”Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.
”Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi bʼebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, nʼessanyu lifuuke okunakuwala. Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
”Waliwo mu mmwe ali mu buzibu? Kirungi asabenga olwʼobuzibu obwo. Nʼabo abeetaaga okwebaza, kirungi bayimbirenga Mukama bulijjo ennyimba ezʼokumutendereza. Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze bʼEkkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo nʼokukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba nʼomutima omumalirivu ogwʼomuntu omutuukirivu, kubeera nʼobuyinza bungi, era nʼebivaamu biba bya ttendo. Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo nʼasaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu nʼekitundu! Ate nʼasaba enkuba nʼetonnya, omuddo nʼebisimbe byonna ne biddamu okumera.
”Kubanga abatuukirivu Mukama abatunuulira nʼekisa, nʼamatu ge gawuliriza bye basaba. Kyokka aboonoonyi abatunuuliza bukambwe.”
”Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda.
”Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.
”Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa nʼokutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.
”Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa.
”Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gyʼali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bwʼasiima atuwulira. Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.
”Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bwʼoli mu mwoyo.
”Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”
”Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”
”Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”
”Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”
”