05 – Eggulu
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Eggulu.
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Eggulu.
Naye nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eriiso bye litalabangako, nʼokutu bye kutawulirangako, nʼomutima gwʼomuntu kye gutalowoozangako Katonda bye yategekera abo abamwagala.”
”Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe eyʼobwakabaka eya Katonda nʼeyʼOmwana gwʼEndiga ziribeera eyo, nʼabaddu be balimuweereza, era banaalabanga amaaso ge, nʼerinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe. Teribaayo kiro, noolwekyo ettaala oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda yʼanaabaakiranga era banaafuganga emirembe nʼemirembe.
”Bangi ku beebase mu nfuufu eyʼensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, nʼabalala eri ensonyi nʼokuswazibwa okutaggwaawo. Abo abalina okutegeera balyakaayakana ngʼokumasamasa kwʼomu bbanga; nʼabo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ngʼemmunyeenye emirembe nʼemirembe.
”Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu nʼensi.
”Mukama Katonda nʼameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. Nʼateeka omuti ogwʼobulamu, nʼomuti ogwʼokumanya ekirungi nʼekibi wakati mu nnimiro.
”Nʼaloota ngʼalaba eddaala eggwanvu nga liva ku nsi okutuuka mu ggulu, era nga bamalayika ba Katonda balikkirako era nga balinnyirako,
”Nʼatya nnyo, nʼagamba nti, “Ekifo kino nga kyantiisa! Ekifo kino ye nnyumba ya Katonda, era guno gwe mulyango gwʼeggulu.”
”Laba, Mukama Katonda wo ye nannyini ggulu, era nʼeggulu erisinga okuba waggulu ennyo nalyo lirye, nʼensi ne byonna ebigirimu.
”Otutunuulire ngʼosinziira mu kifo kyo ekitukuvu gyʼobeera mu ggulu, otuyiweko omukisa gwo ffe abantu bo Abayisirayiri nʼensi gyʼotuwadde nga bwe walayirira bajjajjaffe, nga yʼensi omukulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki.”
”“Naye ddala Katonda anaabeeranga ku nsi? Laba, eggulu nʼeggulu lyʼeggulu terikumala, ne yeekaalu eno toyinza kugigyamu.
”Owulire okwegayirira kwʼomuddu wo, nʼokwʼabantu bo Isirayiri, bwe banasabanga nga batunuulidde ekifo kino. Owulire okuva mu ggulu, ekifo gyʼobeera, era bwʼotuwulira, tukwegayiridde otusonyiwe.”
”Obukulu, nʼamaanyi, nʼekitiibwa, nʼobuwanguzi, nʼokugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda, kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda, era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.
”Ggwe wekka, ggwe Mukama, era ggwe wakola eggulu, nʼeggulu erya waggulu, nʼeggye lyalyo lyonna, nʼensi nʼebigirimu byonna, nʼennyanja nʼebigirimu byonna. Buli kintu gwʼokiwa obulamu, era nʼeggye eryʼomu ggulu likusinza.”
”Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu; Mukama atudde ku ntebe ye eyʼobwakabaka eri mu ggulu. Amaaso ge gatunuulira era geetegereza abaana bʼabantu.
”Olindaga ekkubo eryʼobulamu; wʼoli we wanaabanga essanyu erijjuvu, era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.
”Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta, amwanukula ngʼamuwa obuwanguzi nʼomukono gwe ogwa ddyo, ngʼasinziira mu ggulu lye ettukuvu.
”Yakusaba obulamu, era nʼobumuwa, ennaku ennyingi ezʼemirembe nʼemirembe.
”Alyoke awangaale ennaku zonna nga tatuuse magombe.
”Mukama ava ku lusozi Sinaayi nga yeetooloddwa amagaali enkumi nʼenkumi nʼajja mu kifo kye ekitukuvu.
”Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna, nʼobwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.
”Ngʼeggulu bwe litumbidde ennyo waggulu wʼensi, nʼokwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
”Mukama anywezezza entebe ye eyʼobwakabaka mu ggulu, nʼobwakabaka bwe bufuga ensi yonna.
”Kiri ngʼomusulo gwʼoku lusozi Kerumooni, ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni; kubanga eyo Mukama gyʼagabira omukisa nʼobulamu emirembe gyonna.
”Mu kkubo eryʼobutuukirivu mulimu obulamu, era mu kkubo eryo temuli kufa.
”Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gyʼabantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma.
”Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe empanvu ngʼagulumizibbwa, nʼekirenge kyʼekyambalo kye nga kijjula yeekaalu. Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ngʼalina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, nʼebibiri ngʼabibuusa. Buli omu yali ngʼayogera ne munne nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
”Okufuga kwe nʼemirembe biryeyongeranga obutakoma. Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe, nʼokubuwanirira nʼobwenkanya nʼobutuukirivu okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Obumalirivu bwa Mukama Katonda owʼEggye bulikituukiriza ekyo.
”Omusege gulisulanga wamu nʼomwana gwʼendiga, nʼengo egalamire wamu nʼomwana gwʼembuzi; Era ennyana nʼempologoma nʼennyana eyassava binaagalamiranga wamu; era omwana omuto yalizirabirira.
”era alimalirawo ddala okufa. Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna, era aliggyawo okuswazibwa kwʼabantu be mu nsi yonna. Mukama ayogedde.
”Kubanga bwʼatyo bwʼayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe nʼemirembe, owʼerinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu nʼoyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gwʼabakkakkamu, era nʼogwʼabo ababoneredde.
”Enjuba si yeenekumulisizanga emisana, oba omwezi okukumulisizanga ekiro. Kubanga Mukama yʼanaabeeranga ekitangaala kyo ekyʼemirembe nʼemirembe, era Katonda wo yʼanaabeeranga ekitiibwa kyo. Enjuba yo terigwa nate, nʼomwezi gwo tegulibula; Mukama yʼanaabeeranga ekitangaala kyo ekyʼemirembe nʼemirembe era ennaku zo ezʼokukungubanga zikome. Abantu bo babeere batuukirivu, ensi ebeere yaabwe emirembe nʼemirembe. Ekisimbe kye nnesimbira; omulimu gwʼemikono gyange, olwʼokulaga ekitiibwa kyange.
”“Laba nditonda eggulu eriggya nʼensi empya. Ebintu ebyʼedda tebijja kujjukirwa wadde okulowoozebwako mu mutima.
”Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda, “Eggulu yʼentebe yange kwe nfugira nʼensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange, nnyumba ki gye mulinzimbira? Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?
”“Kubanga nga eggulu eppya nʼensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olwʼamaanyi gange, bwʼayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe nʼerinnya lyammwe bwe birisigala.
”Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Okuggyako ngʼeggulu lisobola okupimibwa nʼemisingi gyʼensi wansi okunoonyezebwa, olwo lwʼendigoba ezzadde lya Isirayiri olwʼebyo bye bakoze,” bwʼayogera Mukama.
”Waggulu wʼekifo ekigazi waggulu wʼemitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe eyʼobwakabaka, eya safiro, ate waggulu wʼekifaananyi ekyʼentebe eyʼobwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ngʼomuntu. Ekyo nakirabira ku kyafaanana ngʼekiwato kye, okwambuka ngʼafaanana ngʼekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; nʼokuva mu kiwato kye okukka ngʼafaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna. Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olwʼenkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi ekyʼekitiibwa kya Mukama. Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi lyʼoyo eyali ayogera.
”Emiti egyʼebibala ebya buli kika girimera eruuyi nʼeruuyi wʼomugga, nʼebikoola byagyo tebiriwotoka era tegiibulengako bibala. Buli mwezi ginaabeerangako ebibala, kubanga amazzi gaagyo agava mu Watukuvu gagifukirira. Ebibala byagyo biriba mmere, nʼebikoola byagyo biriba ddagala eriwonya.”
”“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda wʼeggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna.
”“Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ngʼomwana wʼomuntu, ngʼajja nʼebire ebyʼomu ggulu. Nʼajja okumpi nʼOwedda nʼEdda, nʼasembezebwa mu maaso ge. Nʼaweebwa obuyinza, nʼekitiibwa, nʼobwakabaka nʼamaanyi agava waggulu; abantu bonna, nʼamawanga gonna, nʼabantu abʼennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, nʼobwakabaka bwe tebulizikirizibwa.
”Naye abatukuvu abʼOyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe nʼemirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’
”Nʼoluvannyuma ekitiibwa, nʼobuyinza nʼobukulu obwʼobwakabaka obuli wansi wʼeggulu, buliweebwa abatukuvu bʼOyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, nʼamatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’
”Bangi ku beebase mu nfuufu eyʼensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, nʼabalala eri ensonyi nʼokuswazibwa okutaggwaawo. Abo abalina okutegeera balyakaayakana ngʼokumasamasa kwʼomu bbanga; nʼabo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ngʼemmunyeenye emirembe nʼemirembe.
”“Mwenenye, kubanga obwakabaka obwʼomu ggulu bunaatera okutuuka.”
”Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”
”Okuva mu kiseera ekyo Yesu nʼatandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obwʼomu ggulu busembedde.”
”“Balina omukisa abaavu mu mwoyo, kubanga abo Obwakabaka obwʼomu ggulu bwe bwabwe.
”Balina omukisa abayigganyizibwa olwʼobutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obwʼomu ggulu bwe bwabwe.” “Mulina omukisa mmwe, bwe banaabavumanga, ne babayigganya, ne baboogerako ebibi ebya buli ngeri, ne babawaayiriza, nga babalanga nze. Musanyuke era mujaguze kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, ne bannabbi abʼedda bwe baayigganyizibwa bwe batyo.”
”Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, nʼayigiriza nʼabalala okukola bwe batyo, yʼalisembayo mu bwakabaka obwʼomu ggulu. Naye mbalabula nti Okuggyako ngʼobutuukirivu bwammwe businga obwʼAbafalisaayo nʼobwʼabawandiisi, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.”
”Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti, Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya Lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. Byʼoyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.
”Totuganya kukemebwa naye tulokole eri omubi.
”“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje nʼobutalagge, nʼababbi kwe bayinza okubibbira. Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, nʼababbi gye batayinza kuyingira kububba. Kubanga obugagga bwo gye bubeera nʼomutima gwo gye gubeera.”
”“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene nʼomulyango mugazi, nʼabalonda ekkubo eryo bangi. Kubanga omulyango mufunda, nʼekkubo eridda eri obulamu ffunda, era nʼabaliraba batono.”
”“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obwʼomu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala.
”Mugende mubabuulire nti Obwakabaka obwʼomu ggulu busembedde.
”Ddala ddala mbagamba nti tewabangawo muntu eyazaalibwa omukazi asinga Yokaana Omubatiza. Naye asembayo okuba omukulu mu bwakabaka obwʼomu ggulu asinga Yokaana.
”Abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamubuuza nti, “Lwaki oyogera nabo mu ngero?” Nʼabaddamu nti, “Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama ebyʼobwakabaka obwʼomu ggulu, naye bo tebaakiweebwa.
”Nʼabagerera olugero olulala ngʼagamba nti, “Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼakaweke ka kaladaali, omusajja ke yasiga mu nnimiro. Kaladaali kaweke katono nnyo okusinga ensigo endala zonna. Naye bwe kasimbibwa ne kakula kavaamu omuti omunene ennyo, nʼennyonyi ezʼomu bbanga ne zijja ne zibeera ku matabi gaagwo.”
”Naye abatuukirivu balyakaayakana ngʼenjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu agawulira, awulire.
”“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana nʼekyobugagga ekyakwekebwa mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olwʼessanyu lye yafuna nʼagenda nʼatunda bye yalina byonna, nʼagula ennimiro eyo.
”“Ate era obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼomusuubuzi wʼamayinja agʼomuwendo omungi eyali anoonya amayinja agʼomuwendo, bwe yazuula ejjinja erimu eryʼomuwendo nʼagenda nʼatunda bye yalina byonna nʼaligula.
”“Era obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼakatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri, akatimba bwe kajjula ne bakawalulira ku lubalama ne balondamu ebirungi nga babikuŋŋaanyiza mu bisero, ebibi nga babisuula. Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero yʼensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu nʼababi.
”Kyeyava abagamba nti, “Noolwekyo omuwandiisi eyayiga obulungi amateeka gʼEkiyudaaya ate nʼafuuka omuyigiriza wʼobwakabaka obwʼomu ggulu, ali ngʼomusajja nnyini nnyumba, aggyayo mu tterekero lye ebipya nʼebikadde.”
”Ne bamwegayirira waakiri bakomeko bukomi ku lukugiro lwʼekyambalo kye, era buli eyakomako nʼawonyezebwa.
”Era ndikuwa ebisumuluzo byʼobwakabaka obwʼomu ggulu; era kyonna kyʼonoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli kyʼonoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga.”
”Nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ngʼabaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obwʼomu ggulu.
”“Mwekuume obutanyoomanga nʼomu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti Bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
”“Ddala ddala mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa.
”Naye Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ngʼabo be bannannyini bwakabaka obwʼomu ggulu.”
”Awo omuntu omu nʼamusemberera nʼamubuuza nti, “Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?” Yesu nʼamuddamu nti, “Lwaki ombuuza ebikwata ku birungi? Omulungi ali omu, naye bwʼobanga oyagala okuyingira mu bulamu, ggondera amateeka.” Nʼamuddamu nti, “Ge galuwa?” Yesu nʼamugamba nti, “ ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’” Omuvubuka oyo nʼamuddamu nti, “Ebyo byonna nabikwata dda, ate kiki ekimpeebuuseeko?” Yesu nʼamugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba nʼobugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.” Naye omuvubuka bwe yawulira ebyo nʼagenda ngʼanakuwadde kubanga yali mugagga.
”Awo Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Ddala ddala mbagamba nti, kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka obwʼomu ggulu. Era mbategeeza nti Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo yʼempiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”
”Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana wʼOmuntu bwʼalituula ku ntebe ye eyʼekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi nʼebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi nʼebibiri. Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olwʼerinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.
”“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga eyʼobugole. Nʼatuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga ne batayagala kujja.
”Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu. Naye ebikwata ku kuzuukira kwʼabafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ngʼagamba nti, ‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”
”“Oluvannyuma lwʼebyo akabonero kʼOmwana wʼomuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kwʼamawanga gonna agʼomu nsi, era baliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajja ku bire byʼeggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene.
”Eggulu nʼensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”
”“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaananyizibwa nʼabawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. Abataano tebaalina magezi, abataano abalala ne baba bʼamagezi. Abataalina magezi, ne batatwala mafuta gamala mu ttaala zaabwe. Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe agʼokweyambisa wamu nʼettaala zaabwe.
”“Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano. Mukama we nʼamugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’
”“Awo Kabaka nʼalyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kwʼensi.
”“Abo baligenda ku kibonerezo ekyʼemirembe nʼemirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”
”Awo Yesu nʼasemberera abayigirizwa be nʼabategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.
”Kyokka Yesu bwe yabiraba nʼanyiigira nnyo abayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda. Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ngʼomwana omuto, tagenda kubuyingira nʼakatono.”
”Awo Yesu bwe yali ngʼatambula, omusajja nʼajja gyʼali ngʼadduka, nʼamufukaamirira nʼamubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, nsaanidde kukola ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” Yesu nʼamuddamu nti, “Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi nʼomu wabula Katonda yekka. Amateeka gano ogamanyi. ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ” Nʼamuddamu nti, “Omuyigiriza, ebyo byonna simenyangako na kimu okuva mu buvubuka bwange.” Yesu nʼamutunuulira enkaliriza, nʼamwagala. Nʼamugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna byʼolina, ensimbi zʼonoggyamu ozigabire abaavu, oliba nʼobugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.” Bwe yawulira ebigambo ebyo nʼanyiikaala, nʼagenda ngʼanakuwadde, kubanga yali mugagga nnyo.
”Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebagenda kufumbiriganwa, kubanga bonna baliba nga bamalayika bwe bali mu ggulu. Ate ebifa ku kuzuukira kwʼabafu, temusomanga mu kitabo Musa bwe yali ku kisaka Katonda nʼamugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu era Katonda wa Isaaka era Katonda wa Yakobo?’
”Awo Yesu nʼatunuulira abayigirizwa be enkaliriza nʼagamba nti, “Mulina omukisa abaavu, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe. Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano, kubanga mulikkusibwa. Mulina omukisa abakaaba kaakano, kubanga muliseka. Mulina omukisa bwe babakyawa, ne babeewala, ne babavuma, ne basiiga erinnya lyammwe enziro, olwʼOmwana wʼOmuntu.” “Musanyukanga ku lunaku olwo ne mujaguza, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga ebintu ebyo bajjajjammwe baabikola bannabbi abaabasooka.
”Nʼabaddamu nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ebyama byʼobwakabaka bwa Katonda, naye abalala, njogera gye bali mu ngero, ‘bwe batunula baleme kulaba, bwe bawulira baleme kutegeera.’
”Naye temusanyuka nnyo kubanga baddayimooni babagondera, wabula mujaguze nti Amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”
”Kale laba omunnyonnyozi wʼamateeka nʼasituka, ngʼayagala okugezesa Yesu, nʼamubuuza nti, “Omuyigiriza, nsaana nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?” Yesu nʼamuddamu nti, “Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Gagamba gatya?” Omunnyonnyozi wʼamateeka nʼaddamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼemmeeme yo yonna, nʼamaanyi go gonna, nʼamagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ ” Yesu nʼamugamba nti, “Ozzeemu bulungi. Kale kolanga bwʼotyo oliba mulamu.”
”Naye munoonye obwakabaka bwe, nʼebintu ebyo mulibyongerwako. “Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka. Mutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gyʼatasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera. Kubanga obugagga bwammwe gye buli, nʼomutima gwammwe gye gunaabeeranga.
”Mu ngeri yʼemu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olwʼomwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”
”“Naye Ibulayimu nʼamuddamu nti, ‘Mwana wange, jjukira nga mu biseera byo ngʼokyali mulamu wafuna ebirungi bye weetaaganga, naye nga Laazaalo ye afuna bibi. Kaakano Laazaalo asanyusibwa naye gwe oli mu kubonaabona. Ate nʼekirala, wakati waffe nammwe waliwo olukonko luwanvu nnyo olutwawula, omuntu ali eno bwʼayagala okujja eyo akoma awo ku mugo gwalwo, nʼoyo ali eyo ayagala okujja eno tasobola.’
”Naye Yesu abaana nʼabayita, nʼagamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be bʼobwakabaka bwa Katonda. Ddala ddala mbagamba nti Atayaniriza bwakabaka bwa Katonda ngʼomwana omuto, talibuyingiramu nʼakatono.”
”Awo omu ku bakulembeze bʼAbayudaaya nʼabuuza Yesu nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” Yesu nʼamuddamu nti, “Lwaki ompita omulungi? Tewali mulungi wabula Katonda yekka. Amateeka ogamanyi nti, ‘Toyendanga, tottanga, tobbanga, tolimbanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ” Nʼamuddamu nti, “Amateeka ago gonna ngagondedde ebbanga lyonna okuva mu buto bwange.” Yesu bwe yawulira ebyo, nʼamugamba nti, “Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi zʼonoggyamu ozigabire abaavu, olibeera nʼobugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.” Naye bwe yawulira ebigambo ebyo nʼagenda ngʼanakuwadde nnyo, kubanga yali mugagga nnyo. Yesu bwe yamulaba ngʼanakuwadde nnyo, nʼayogera nti, “Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo yʼempiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?” Yesu nʼaddamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”
”Yesu nʼaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Teri muntu nʼomu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olwʼobwakabaka bwa Katonda, atalifuna mirundi mingi nʼokusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.”
”Nʼalyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bwʼolijja mu bwakabaka bwo.” Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti Olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”
”Ddala ddala nkugamba nti Oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana wʼOmuntu.”
”Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bwʼatazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” Nikodemo nʼamuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bwʼaba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, nʼazaalibwa?” Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ngʼomuntu azaaliddwa amazzi nʼOmwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, nʼekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo.
”Naye obanga temukkiriza bwe mbabuulira ebyʼensi, kale munaasobola mutya okukkiriza bwe nnaababuulira ebyʼomu ggulu? Kubanga tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, okuggyako eyava mu ggulu, ye Mwana wʼOmuntu. Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo nʼOmwana wʼOmuntu kimugwanira okuwanikibwa, buli amukkiriza alyoke afune obulamu obutaggwaawo. “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.
”Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”
”Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”
”“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, nʼakkiriza eyantuma, aba nʼobulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ngʼatuuse mu bulamu.
”“Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.
”Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti Muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira.
”Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana wʼOmuntu gyʼalibawa, kubanga Kitaawe wʼOmwana amussizaako akabonero.”
”Kubanga Kitange kyʼayagala kye kino nti buli alaba Omwana we nʼamukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olwʼenkomerero.”
”“Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba nʼobulamu obutaggwaawo!
”Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bwʼalya ku mmere eno aliba mulamu emirembe nʼemirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”
”Buli alya omubiri gwange nʼanywa nʼomusaayi gwange, ngʼafunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olwʼenkomerero.
”Simooni Peetero nʼamuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gwʼolina ebigambo byʼobulamu obutaggwaawo.
”Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali nʼomu ayinza kuzisikula mu mikono gyange,
”Yesu nʼamugamba nti, “Nze kuzuukira nʼobulamu; akkiriza nze newaakubadde ngʼafudde, aliba mulamu, na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe nʼemirembe. Ekyo okikkiriza?” Maliza nʼamugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti Ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”
”Buli eyeemalira ku bulamu bwe alibufiirwa, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno, alibusigaza mu bulamu obutaggwaawo.
”Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye. Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera.
”Yesu bwe yamala okwogera ebyo nʼayimusa amaaso ge nʼatunula eri eggulu, nʼayogera nti, “Kitange ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, nʼomwana alyoke akugulumize, nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu owʼamazima, nʼoyo gwe watuma, Yesu Kristo.
”Yesu nʼaddamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa bubadde bwa mu nsi eno abaweereza bange bandirwanye ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”
”‘Eggulu yʼentebe yange eyʼobwakabaka. Nʼensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange. Mukama nʼagamba nti, Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki? Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
”Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo.
”ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.”
”Nʼabuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era nʼayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.
”Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi eryʼokuweebwa ekitiibwa, ettendo nʼobulamu obwʼemirembe nʼemirembe.
”Ngʼekibi bwe kyafugira mu kufa, nʼekisa kya Katonda kifugira mu butuukirivu ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.
”Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, nʼenkomerero bwe bulamu obutaggwaawo. Empeera yʼekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.
”Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.
”Naye nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eriiso bye litalabangako, nʼokutu bye kutawulirangako, nʼomutima gwʼomuntu kye gutalowoozangako Katonda bye yategekera abo abamwagala.”
”Era bwe kiri mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, ne guzuukizibwa nga si gwa kuvunda. Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo. Kale obanga waliwo omubiri obubiri, era waliwo omubiri ogwʼomwoyo, kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ngʼalina obulamu.” Kyokka Adamu owʼoluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu. Naye ekyʼomwoyo si kye kyasooka, wabula ekyʼomubiri obubiri kye kyasooka, nʼoluvannyuma ekyʼomwoyo ne kijja. Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu. Ngʼeyakolebwa mu nfuufu bwʼali, nʼabo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. Era nga bwe tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tulifaanana oyo eyava mu ggulu.
”Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti Omubiri guno ogwʼoku nsi, ogwʼennyama nʼomusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera. Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe eyʼenkomerero bwʼerivuga ffenna tulifuusibwa mu kaseera katono ngʼokutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, nʼabafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa. Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa. Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.” “Ggwe Kufa, obuwanguzi bwo buluwa? Ggwe Kufa, amaanyi go agalumya galuwa?” Obuyinza obulumya buva mu kibi, nʼamaanyi gʼekibi gava mu mateeka.
”Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okwʼekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa ekyʼamaanyi ekyʼemirembe nʼemirembe. Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.
”Kubanga tumanyi ngʼennyumba yaffe eyʼensiisira eyʼoku nsi bwʼerisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, eyʼolubeerera eyʼomu ggulu. Kubanga tusindira mu nnyumba eno, nga twegomba okwambazibwa ennyumba yaffe eriva mu ggulu.
”Noolwekyo tuli bagumu era tuli basanyufu, wakiri okuva mu mibiri guno ne tubeera ewaffe mu ggulu ne Mukama waffe.
”Waliwo omusajja wa Kristo gwe mmanyi, emyaka kkumi nʼena egiyise yatwalibwa mu ggulu eryokusatu. Naye oba yatwalibwa ngʼali mu mubiri, oba nga tali mu mubiri, nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi. Era mmanyi ngʼomuntu oyo, oba mu mubiri oba ngʼaggiddwa mu mubiri nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi, nga yatwalibwa mu nnimiro lwa Katonda nʼawulira ebintu bingi ebyʼekyewuunyo omuntu byʼatakkirizibwa kwatula.
”Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu kyʼasiga era kyʼalikungula. Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.
”Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogwʼomwoyo oguva mu ggulu.
”Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu nʼabatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda.
”Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde. Naye obanga bwe mba omulamu mu mubiri ngʼekyo kibala kyʼokufuba kwange, simanyi kye nnaalondawo. Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi.
”Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. Kale bwʼalijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ngʼogugwe ogwʼekitiibwa, ngʼakozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.
”Katonda eyatuwonya nʼatuggya mu maanyi gʼekizikiza aga Setaani, nʼatutwala mu bwakabaka bwʼOmwana we omwagalwa,
”Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi,
”nga tubabuulirira era nga tubagumya mu mwoyo era nga tubaweerako obujulirwa, ne tubakuutira okutambulanga nga musaanira mu maaso ga Katonda, oyo abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ye ne mu kitiibwa kye.
”Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bwʼaliva mu ggulu, ne bamalayika be abʼamaanyi,
”Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo. Kabaka owʼolubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe nʼemirembe. Amiina.
”Kubanga okumanyiiza omubiri kigasa katono, naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi eryʼomu bulamu buno era nʼeryʼobwo obugenda okujja.
”Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu.
”Lwananga okulwana okulungi okwʼokukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, nʼoyatula okwatula okulungi mu maaso gʼabajulirwa abangi.
”bakole ebirungi, babe bagagga mu bikolwa ebirungi, nga bagabi, era abaagala okugabana nʼabalala. Bwe batyo beeterekere obugagga obwʼengeri eyo nga gwe musingi omulungi ogwʼebiseera ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu bwennyini.
”Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kwʼOmulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, nʼaleeta obulamu obutazikirizibwa ngʼayita mu Njiri,
”Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe nʼemirembe. Amiina.
”ebyesigamye ku kusuubira okwʼobulamu obutaggwaawo, Katonda owʼamazima kwe yasuubiza ngʼebiro ebyʼemirembe nʼemirembe tebinnabaawo,
”Bwe tulimala okutukuzibwa olwʼekisa kye, tulyoke tufune omugabo mu kusuubira obulamu obutaggwaawo.
”Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo eyʼObwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe nʼemirembe; obutuukirivu, gwe muggo ogwʼobwakabaka bwo.
”Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka.
”Era bwe yamala okutuukirizibwa, nʼafuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda.
”Ebifaananyi byʼebintu ebyʼomu ggulu kyebiva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu ebyʼomu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo. Kubanga Kristo teyayingira mu kifo kya Watukuvu wʼAwatukuvu ekyakolebwa nʼemikono gyʼabantu, naye yayingira mu ggulu mwennyini gyʼali kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe.
”Naye kaakano beegomba ensi esingako, ye yʼomu ggulu. Katonda kyava aba Katonda waabwe, nga tekimuswaza kuyitibwa bwʼatyo, kubanga abateekeddeteekedde ekibuga.
”Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne mu kibuga kya Katonda omulamu, mu Yerusaalemi ekyʼomu ggulu nʼeri enkumi nʼenkumi ezʼabamalayika abakuŋŋaanye, nʼeri ekkanisa eyʼabo abaasooka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu ggulu, nʼeri Katonda Omulamuzi wa bonna, nʼeri emyoyo egyʼabantu abaatukirizibwa,
”Kubanga wano ku nsi tetulinaawo kibuga kya lubeerera, wabula tulindirira ekyo ekijja.
”Bwʼatyo nʼatusuubiza omugabo mu busika, ogwʼolubeerera ogutakyusa langi era ogutafuma, gwʼatuterekedde mu ggulu.
”eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼafuga bamalayika nʼaboobuyinza, nʼabaamaanyi abʼomu ggulu.
”Kale, abooluganda mweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwammwe ne mu kuyitibwa kwammwe. Kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temulyesittala nʼomulundi nʼogumu. Era mulyanirizibwa nʼessanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
”Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya nʼensi empya omuli obutuukirivu.
”Tubawandiikira ku Kigambo owʼobulamu, eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira, gwe twalaba nʼamaaso gaffe, era gwe twakwatako nʼengalo zaffe. Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli.
”Ensi nʼokwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda byʼayagala abeerera emirembe gyonna.
”Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza: obulamu obutaggwaawo.
”Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bwʼalirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bwʼali.
”Era buno bwe bujulirwa nti: “Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu buno buli mu Mwana we.” Buli alina Omwana alina obulamu, naye oyo atalina Mwana wa Katonda talina bulamu. Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya lyʼOmwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti Mulina obulamu obutaggwaawo.
”Era tumanyi ngʼOmwana wa Katonda yajja mu nsi, nʼatuwa okutegeera tumanye Katonda owʼamazima, era tuli mu oyo Katonda owʼamazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda owʼamazima nʼobulamu obutaggwaawo.
”nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olwʼobulamu obutaggwaawo.
”Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogwʼobulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.”
”Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo kyʼobulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti Oyo muntu wange.
”Buli awangula ndimukkiriza okutuula ngʼanninaanye, ku ntebe yange eyʼobwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye.
”Laba, oluvannyuma lwʼebyo ne ndaba oluggi oluggule mu ggulu, era ne mpulira nʼeddoboozi lye limu lye nawulira olubereberye eryali livuga ngʼeryekkondere nga liŋŋamba nti, “Yambuka wano nkulage ebyo ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa biri.” Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe eyʼobwakabaka ngʼetegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko. Eyali agituddeko yali ayakaayakana ngʼamayinja agʼomuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ngʼentebe eyo yeetooloddwa musoke ngʼayakaayakana nga zumaliidi. Entebe eyʼobwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe.
”Mu ntebe eyo eyʼobwakabaka ne muvaamu okumyansa nʼamaloboozi nʼokubwatuka. Mu maaso gʼentebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gyʼemyoyo omusanvu egya Katonda. Ne mu maaso gʼentebe eyo waaliwo ekiri ngʼennyanja eyʼendabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi nʼemabega waabyo nga biri wakati wʼentebe eyʼobwakabaka nʼokugyetooloola. Ekisooka ku biramu bino kyali ngʼempologoma, ekyokubiri nga kifaanana ngʼennyana, nʼekyokusatu kyalina amaaso ngʼagʼomuntu, nʼekyokuna kyali ngʼempungu, ebuuka. Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana nʼekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti, “Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna, Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”
”Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa nʼettendo nʼokwebaza, Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso gʼOyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, omulamu emirembe nʼemirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso gʼentebe eyo, nga bwe bagamba nti, “Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa nʼettendo nʼobuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”
”Nʼobafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda okumuweerezanga, era be balifuga ensi.” Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi nʼenkumi, nʼenkuyanja nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka awamu nʼebiramu biri nʼabakadde bali.
”Oluvannyuma lwʼebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kyʼabantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina nʼenkindu mu ngalo zaabwe. Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nga bagamba nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe eyʼobwakabaka era bwa Mwana gwʼEndiga.” Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka nʼabakadde era nʼebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ngʼebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda. Ne bayimba nti, “Amiina! Okutenderezebwa, nʼekitiibwa, nʼamagezi, nʼokwebazibwa, nʼettendo, nʼobuyinza, nʼamaanyi, bibe eri Katonda waffe emirembe nʼemirembe. Amiina!”
”Kyebavudde babeera wano mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka eya Katonda nga bamusinza emisana nʼekiro mu Yeekaalu ye. Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, anaaberanga nabo ngʼabalabirira. Tebaliddayo kulumwa njala wadde ennyonta, newaakubadde omusana okubookya wadde ekyokya ekirala kyonna; kubanga Omwana gwʼEndiga ayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka, yʼanaabeeranga omusumba waabwe era yʼanaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ezʼamazzi agʼobulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
”Awo Yeekaalu ya Katonda eyʼomu ggulu nʼeggulwawo, nʼessanduuko eyʼendagaano nʼerabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa nʼokubwatuka kwʼeggulu nʼomuzira omungi ogwʼamaanyi era ensi yonna nʼekankanyizibwa musisi owʼamaanyi ennyo.
”Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika abʼomu kibinja kye ne balwanyisa ogusota nʼeggye lya bamalayika baagwo. Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu.
”Malayika nʼaŋŋamba nti, “Wandiika nti Balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo kyʼembaga eyʼobugole eyʼOmwana gwʼEndiga.” Nʼayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.”
”Awo ne ndaba entebe eyʼobwakabaka enjeru nʼOyo eyali agituddeko. Ensi nʼebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka.
”Awo ne ndaba eggulu eriggya nʼensi empya. Eggulu eryasooka nʼensi eyasooka byali biweddewo nga nʼennyanja tekyaliwo. Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ngʼomugole bwʼabeera ku mbaga eyʼobugole bwe, ngʼayonjereddwa bbaawe. Ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka nga lyogera okuva mu ntebe eyʼobwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”
”Oyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka nʼagamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era nʼaŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!” Nʼaŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ezʼamazzi amalamu, agʼobuwa. Buli awangula alifuna ebyo byonna ngʼomugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange. Naye abo ababi nʼabatakkiriza nʼabagwagwa, nʼabassi, nʼabenzi, nʼabalogo nʼabasinza ebifaananyi, nʼabalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja eyʼomuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.” Awo omu ku bamalayika omusanvu abaali bamaze okuyiwa ebibya ebyalimu ebibonoobono omusanvu ebyʼenkomerero nʼajja nʼaŋŋamba nti, “Jjangu nkulage omugole wʼOmwana gwʼEndiga.”
”Nʼantwala ku ntikko yʼolusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; nʼandaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kyonna kijjudde ekitiibwa kya Katonda era nga kimasamasa ngʼejjinja eryʼomuwendo omungi, erya yasepi, eritangalijja. Bbugwe waakyo yali mugazi era nga mugulumivu, ngʼaliko emiryango kkumi nʼebiri era nga gikuumibwa bamalayika kkumi na babiri, nʼamannya gʼebika ekkumi nʼebibiri ebya Isirayiri nga gawandiikibbwa ku miryango egyo. Ku luuyi olwʼebuvanjuba kwaliko emiryango esatu, ne ku luuyi olwʼobukiikakkono nga kuliko emiryango esatu, ne ku luuyi olwʼobukiikaddyo nga kuliko emiryango esatu, era ne ku luuyi olwʼobugwanjuba nga kuliko emiryango esatu. Bbugwe yaliko amayinja agʼomusingi kkumi nʼabiri agʼabatume bʼOmwana gwʼEndiga.
”Malayika eyali ayogera nange yali akutte mu mukono gwe omuggo ogwa zaabu ogupimisibwa, apime ekibuga, emiryango gyakyo era ne bbugwe waakyo. Ekibuga kyali kyenkanankana enjuuyi zonna, nʼobuwanvu nabwo nga bwenkana nʼobugazi awamu nʼobukiika. Byonna byali bipima kilomita enkumi bbiri mu ebikumi bina, buli kimu nga kyenkanankana ne kinnaakyo. Ate nʼapima ne bbugwe waakyo ne kiweza mita nkaaga mu mukaaga ngʼekipimo kyʼomuntu bwe kiri ngʼapimye, awamu nʼekyʼabamalayika. Bbugwe waakyo yali azimbiddwa nʼamayinja agayesipi nga nʼekibuga kya zaabu omulongoose nga kitangalijja ngʼendabirwamu ennungi. Emisingi gya bbugwe wʼekibuga nga giyooyooteddwa nʼamayinja agʼomuwendo omungi ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa nʼamayinja aga yasepi, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kalukedoni, ogwokuna aga nnawandagala, ogwokutaano aga sadonukisi, ogwʼomukaaga sadiyo, ogwʼomusanvu aga kerusoliso, ogwʼomunaana aga berulo, ogwʼomwenda aga topazi, ogwʼekkumi aga kerusoperaso, ogwʼekkumi nʼogumu aga kuwakinso, nʼogwʼekkumi nʼebiri aga amesusito. Ate emiryango ekkumi nʼebiri gyakolebwa nʼamayinja agʼomuwendo aga luulu ennungi kkumi nʼabiri, nga buli mulyango gukoleddwa nʼejjinja lya luulu limu. Ate lwo oluguudo olunene olwʼekibuga lwali lwa zaabu ennungi etangalijja ngʼendabirwamu.
”Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu nʼOmwana gwʼEndiga, bo ye yeekaalu yaakyo. Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gwʼEndiga ye ttaala yaakyo. Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga agʼomu nsi, era abafuzi abʼomu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa. Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro. Kirifuna ekitiibwa nʼettendo ebyʼamawanga. Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo ekyʼobulamu ekyʼOmwana gwʼEndiga.
”Awo malayika nʼandaga omugga ogwʼamazzi agʼobulamu agamasamasa ngʼendabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe eyʼobwakabaka eya Katonda, nʼeyʼOmwana gwʼEndiga, nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ezʼomugga kwaliko emiti egyʼobulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi nʼebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala ebyʼengeri endala; nʼamakoola gaagwo nga gakozesebwa ngʼeddagala okuwonya amawanga. Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe eyʼobwakabaka eya Katonda nʼeyʼOmwana gwʼEndiga ziribeera eyo, nʼabaddu be balimuweereza, era banaalabanga amaaso ge, nʼerinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe. Teribaayo kiro, noolwekyo ettaala oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda yʼanaabaakiranga era banaafuganga emirembe nʼemirembe.
”“Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa olukusa okuyingira mu miryango gyʼekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogwʼobulamu.
”Omwoyo nʼOmugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi agʼobulamu agʼobuwa.
”