07 – Olunaku lw’okusala omusango

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Olunaku lw’okusala omusango.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Awo ne ndaba entebe eyʼobwakabaka enjeru nʼOyo eyali agituddeko. Ensi nʼebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. Ne ndaba abafu abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, nʼekitabo ekirala kyʼekitabo ekyʼobulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ngʼebikolwa bye bwe byali.

Ngʼabantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu nʼoluvannyuma okulamulwa ne kutuuka,

Kyokka buli agaana Nze era nʼagaana nʼebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olwʼenkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 177 ebitundu

Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama nʼamulabikira, nʼamugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.

Kireme okuba gyʼoli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu nʼababi, abatuukirivu ne benkana nʼababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi owʼensi yonna teyandisaanye akole kituufu?”

Kikugwanira obenga muwulize nnyo, atuukiridde mu maaso ga Mukama Katonda wo.

Sizzanga na musango mu maaso ge, era neekuumye eri obutali butuukirivu.

Awo emiti egyʼomu kibira ginaayimba, ginaayimbira Mukama nʼessanyu, kubanga akomawo okusalira ensi omusango.”

“Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga nʼomutima gumu nʼemmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okwʼebirowoozo. Bwʼonoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bwʼonoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna.

Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu, era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi. Era ngʼolususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda; nze mwene ndimulaba, nʼamaaso gange, Nze, so si mulala. Emmeeme yange ngʼeyaayaana munda mu nze! Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya, kubanga ensibuko yʼemitawaana eri mu ye;’ nammwe bennyini musaana mutye ekitala. Kubanga obusungu buleeta okubonereza okwʼekitala, olwo mulyoke mumanye ngʼeriyo okusalirwa omusango.”

nti omusajja omukozi wʼebibi awona ku lunaku olwʼemitawaana, era awona ku lunaku olwʼekiruyi?

leka mpimibwe ku minzaani ya Katonda amanye obutuukirivu bwange.

Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo. Bali ngʼebisusunku ebifuumuuliddwa. Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango; newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina kyʼabatuukirivu. Kubanga Mukama alabirira ekkubo lyʼabatuukirivu, naye ekkubo lyʼabakola ebibi liribula.

Naye Mukama afuga emirembe gyonna; era ataddewo entebe ye eyʼokusalirako emisango. Aliramula ensi mu butuukirivu, era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.

Ababi balisuulibwa emagombe; ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.

Sisobyanga mu maaso ge era nneekuuma obutayonoona.

Ababi basalira abatuukirivu enkwe, ne babalumira obujiji. Naye Mukama asekerera ababi, kubanga amanyi ngʼentuuko zaabwe ziri kumpi.

Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe, ddala ddala alintwala gyʼali.

Tobakkiriza kudduka ne bawona; mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga. Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi; amaziga gange gateeke mu ccupa yo! Wagawandiika.

Bawanduukululwe mu kitabo kyʼobulamu; baleme kulabika ku lukalala lwʼabatuukirivu.

Olitunuulira butunuulizi nʼamaaso go; nʼolaba ekibonerezo kyʼomukozi wʼebibi.

Kubanga Mukama ajja; ajja okusalira ensi omusango. Mukama aliramula ensi mu butuukirivu, nʼabantu bonna abalamule mu mazima.

byonna biyimbe mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okulamula ensi. Aliramula ensi mu butuukirivu; aliramula amawanga mu bwenkanya.

Wandaba nga si natondebwa. Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera zawandiikibwa mu kitabo kyo.

Mukama akuuma bonna abamwagala, naye abakola ebibi alibazikiriza.

Obugagga tebugasa ku lunaku olwʼokusalirwako omusango, naye obutuukirivu buwonya okufa.

Ne njogera munda yange nti Katonda aliramula abatuukirivu nʼaboonoonyi; kubanga yateekawo ekiseera ekya buli kimu; era na buli mulimu.

Obwatiikirivu bwʼerinnya eddungi businga ebyʼakawoowo ebirungi; nʼolunaku olwʼokufa lusinga olwo olwʼokuzaalirwako.

Kale byonna biwuliddwa; eno yʼenkomerero yaabyo: Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge, kubanga ekyo omuntu kyʼagwanira okukola. Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa; ekyo ekyakwekebwa, nga kirungi oba nga kibi.

Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, nʼentiisa eyʼokubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.

Ndibonereza ensi olwʼokwonoona kwʼayo, nʼabakozi bʼebibi olwʼebyonoono byabwe. Era ndimalawo okweyisa kwʼabʼamalala era nzikakkanya okwenyumiriza kwʼabo abakambwe.

era alimalirawo ddala okufa. Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna, era aliggyawo okuswazibwa kwʼabantu be mu nsi yonna. Mukama ayogedde.

Naye abafiira mu ggwe balirama, emibiri gyabwe girizuukira. Mugolokoke, muleekaane olwʼessanyu. Ssuulwe wo ali ngʼomusulo ogwʼoku makya, ensi erizaala abafudde.

Obwereere bwo bulibikkulwa; obusungu bwo bulyeraga. Nzija kuwoolera eggwanga; tewali muntu yenna gwe ndirekawo.” Omununuzi waffe Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye, ye Mutukuvu wa Isirayiri.

Okulangirira omwaka gwa Mukama ogwʼokulabiramu obulungi bwe; olunaku lwa Mukama olwʼokuwalanirako eggwanga era nʼokuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.

“Laba nditonda eggulu eriggya nʼensi empya. Ebintu ebyʼedda tebijja kujjukirwa wadde okulowoozebwako mu mutima.

“Kubanga nga eggulu eppya nʼensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olwʼamaanyi gange, bwʼayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe nʼerinnya lyammwe bwe birisigala. Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, nʼokuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bwʼayogera Mukama Katonda. “Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gyʼabasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so nʼomuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”

Buli kiramu, kyange; obulamu bwʼomuzadde nʼobwʼomwana bwonna nabwo bwange.

“Era nga nkyali awo ne ndaba, entebe ezʼobwakabaka nga ziteekeddwawo, nʼOwedda nʼEdda nʼatuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka. Ebyambalo bye byali byeru ngʼomuzira, nʼenviiri ezʼoku mutwe gwe nga njeru ngʼebyoya byʼendiga. Entebe ye eyʼobwakabaka yali eyakaayakana ngʼennimi zʼomuliro, ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro. Omugga gwʼomuliro nga gukulukuta, nga gukulukutira awo mu maaso ge. Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga, nʼemitwalo nʼemitwalo baayimiriranga mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kutandika, ebitabo ne bibikkulwa.

Naye abatukuvu abʼOyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe nʼemirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’

Awo bwe nnali nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana nʼabatukuvu ne lyagala okubawangula, okutuusa owʼEdda nʼEdda bwe yajja nʼasala omusango, abatukuvu bʼOyo Ali Waggulu Ennyo ne bagusinga, era nʼekiseera ne kituuka ne baweebwa obwakabaka.

Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo nʼamateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu nʼekitundu. “ ‘Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, nʼobuyinza bwe ne bumuggyibwako, ne buzikiririzibwa ddala. Nʼoluvannyuma ekitiibwa, nʼobuyinza nʼobukulu obwʼobwakabaka obuli wansi wʼeggulu, buliweebwa abatukuvu bʼOyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, nʼamatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’

“Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera ekyʼokubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kwʼamawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa. Bangi ku beebase mu nfuufu eyʼensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, nʼabalala eri ensonyi nʼokuswazibwa okutaggwaawo. Abo abalina okutegeera balyakaayakana ngʼokumasamasa kwʼomu bbanga; nʼabo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ngʼemmunyeenye emirembe nʼemirembe. Naye ggwe Danyeri, bikka era osse envumbo ku kitabo okutuusa ekiseera ekyʼenkomerero lwe kirituuka. Bangi balitambula eno nʼeri, era nʼokumanya nʼamagezi kulyeyongera.”

“Naye ggwe tambula makubo go okutuusa enkomerero lwe lituuka. Oliwummula, ne ku nkomerero oligolokoka nʼoweebwa omugabo gwo gwe wategekerwa.”

“Olunaku luli kumpi kwe ndisalira amawanga gonna omusango. Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa. Ebikolwa byammwe biribaddira.

Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi nʼAbasaddukaayo nga bajja okubatizibwa nʼabagamba nti, “Mmwe, abaana bʼessalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?

Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala, gutemebwa gusuulibwe mu muliro, gugye.”

Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”

Noolwekyo obanga eriiso Lyo erya ddyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule wala. Kubanga kirungi okugenda mu ggulu ngʼebitundu byo ebimu tobirina okusinga okugenda nabyo byonna mu ggeyeena. Era obanga omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ebibi, kirungi okugutemako ogusuule wala. Okugenda mu ggulu ngʼekitundu kyʼomubiri gwo ekimu tokirina kisinga okugenda mu ggeyeena nʼebitundu byʼomubiri gwo byonna.

Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.”

“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene nʼomulyango mugazi, nʼabalonda ekkubo eryo bangi. Kubanga omulyango mufunda, nʼekkubo eridda eri obulamu ffunda, era nʼabaliraba batono.”

Mulibalabira ku bikolwa byabwe, ngʼomuti bwe mugutegeerera ku bibala byagwo. Omuntu tayinza kunoga mizabbibu ku busaana oba okunoga ettiini ku mweramannyo. Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi. Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, nʼomuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi. Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro. Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”

“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obwʼomu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala. Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga ebyʼobunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola nʼebyamagero bingi mu linnya lyo.’ Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”

Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu, eyʼoku bigere byammwe. Ddala ddala mbagamba nti Ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olwo ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago.

Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo nʼomubiri mu ggeyeena.

Ddala ddala Ttuulo ne Sidoni biriyisibwa bulungiko okusinga mmwe ku lunaku olwʼokusalirako omusango! Naawe Kaperunawumu, newaakubadde nga wagulumizibwa okutuuka eggulu gye likoma, naye olitoowazibwa okutuuka wansi ggeyeena gyʼeri. Kubanga ebyamagero ebyʼekitalo ebyakolebwa ewuwo, singa byakolerwa mu Sodomu, kyandibadde kikyaliwo ne leero. Ddala ddala Sodomu kigenda kuyisibwa bulungiko, okusinga ggwe, ku lunaku olwʼokusalirako omusango!”

Era mbategeeza nti Buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olwʼokusalirako emisango. Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango.”

Ennimiro yʼensi, nʼensigo ennungi be baana bʼobwakabaka, naye omuddo be baana ba Setaani. Omulabe eyasiga ensigo ezʼomuddo ye Setaani, amakungula yʼenkomerero yʼensi nʼabakunguzi be bamalayika. “Noolwekyo ngʼomuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero yʼensi. Omwana wʼOmuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, nʼabajeemu, babasuule mu nkoomi yʼomuliro. Omwo mwe muliba okukaaba nʼokuluma obujiji. Naye abatuukirivu balyakaayakana ngʼenjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu agawulira, awulire.

“Era obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼakatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri, akatimba bwe kajjula ne bakawalulira ku lubalama ne balondamu ebirungi nga babikuŋŋaanyiza mu bisero, ebibi nga babisuula. Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero yʼensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu nʼababi. Ababi balibasuula mu nkoomi yʼomuliro eriba okukaaba nʼokuluma obujiji.”

Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, nʼobwenzi, nʼobukaba, nʼobubbi, nʼokuwaayiriza, nʼokuvvoola.

Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye nʼafiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olwʼobulamu bwe? Kubanga Omwana wʼOmuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ngʼebikolwa bye bwe byali.

Nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ngʼabaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obwʼomu ggulu.

“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga eyʼobugole. Nʼatuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga ne batayagala kujja.

“Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, nʼalaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. Kabaka nʼamubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina kyʼaddamu. “Awo kabaka nʼalagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono nʼamagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba nʼokuluma obujiji.’

“Mmwe emisota! Abaana bʼembalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena?

Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa.

“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaananyizibwa nʼabawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. Abataano tebaalina magezi, abataano abalala ne baba bʼamagezi. Abataalina magezi, ne batatwala mafuta gamala mu ttaala zaabwe. Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe agʼokweyambisa wamu nʼettaala zaabwe. Naye anaawasa omugole bwe yalwawo okutuuka otulo ne tubakwata bonna, ne beebaka. “Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, ‘Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!’ “Abawala embeerera bonna ne bazuukuka ne baseesa ettaala zaabwe. Awo abawala abataano abataalina magezi ne bagamba nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe zaagala kuzikira ziggweerera.’ “Naye bannaabwe ne babaddamu nti, ‘Amafuta ge tulinawo gatumala bumazi. Mugende mu maduuka mwegulireyo.’ “Naye baali baakagenda anaawasa omugole nʼatuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo. Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, ‘Ssebo, tuggulirewo!’ Naye nʼabaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!’

“Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano. Mukama we nʼamugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’

“Omwana wʼOmuntu bwʼalijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe eyʼekitiibwa kye. Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ngʼomusumba bwʼayawulamu endiga nʼembuzi. Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo nʼembuzi ku gwa kkono. “Awo Kabaka nʼalyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kwʼensi. Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza, nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’ “Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala ne tukuliisa? Oba ngʼolina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? Oba ngʼoli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ngʼoli bwereere, ne tukwambaza? Twakulaba ddi ngʼoli mulwadde oba ngʼoli mu kkomera ne tukulambula?’ “Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’ “Bwʼatyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa, nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’ “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala oba ngʼoli muyonta, oba ngʼoli mugenyi oba ngʼoli bwereere oba mulwadde oba ngʼoli mu kkomera, ne tutakuyamba?’ “Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’ “Abo baligenda ku kibonerezo ekyʼemirembe nʼemirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”

Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe nʼemirembe naye alisingibwa omusango olwʼekibi ekyʼemirembe nʼemirembe.”

Era bwe mutuukanga mu kifo ne batabaaniriza yadde okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo mukunkumuliranga mu kifo omwo enfuufu eyʼomu bigere byammwe, okuba akabonero gye bali.”

Kubanga mu mutima gwʼomuntu mwe muva ebirowoozo ebibi ebyʼobukaba, nʼobubbi, nʼobutemu, nʼobwenzi, nʼokwegomba, nʼomutima omubi, nʼobukuusa, nʼobumenyi bwʼamateeka, nʼobuggya, nʼokusekeeterera, nʼobusirusiru.

“Na buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze, kwe kumusiba ejjinja eryʼolubengo olunene, nʼasuulibwa mu nnyanja. Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Okuba nʼomukono ogumu nʼoyingira mu bulamu kisinga okuba nʼemikono ebiri nʼolaga mu ggeyeena, envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira. Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema nʼoyingira mu bulamu kisinga okuba nʼebigere ebibiri nʼolaga mu ggeyeena envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira. Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ngʼoli wa liiso limu okusinga okubeera nʼamaaso go gombi, nʼosuulibwa mu ggeyeena, envunyu gye zitafa nʼomuliro gye gutazikira.

Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga.

nʼolugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye nʼokukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya nʼomuliro ogutazikira.”

Tewali ekyabikkibwa ekitalibikkulwa, newaakubadde ekyakwekebwa ekitalizuulibwa. Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, nʼebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge nʼenzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bwʼennyumba. “Kaakano mikwano gyange, temubatyanga abo abatta omubiri, naye ne batabaako kirala kye bayinza kukola. Naye nzija kubalaga gwe musaanidde okutya. Mutyenga oyo alina obuyinza okutta ate nʼokusuula mu ggeyeena. Weewaawo mbagamba nti Oyo gwe musaanye okutyanga.

Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe mugenda kuzikirira ngʼabo bwe baazikirira.

Ne wabaawo eyeewuunya nti, “Mukama waffe, abantu abalirokolebwa nga baliba batono?” Yesu nʼaddamu nti, “Mufube okuyingira mu mulyango omufunda kubanga mbagamba nti, bangi balyagala okuyingira naye tebalisobola. Nannyinimu bwʼalisituka nʼaggalawo oluggi, mugenda kubeera bweru nga mukonkona nga bwe mwegayirira nti, ‘Mukama waffe, tuggulirewo.’ Agenda kubaanukula nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo.’ Nammwe muliddamu nti, ‘Twalyanga naawe era twanywanga ffenna, era wayigirizanga mu nguudo zʼewaffe.’ Naye alibaddamu nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo. Munviire mwenna abakozi bʼebitali bya bituukirivu.’ Era walibaawo okukuba ebiwoobe nʼokuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo ne bannabbi bonna nga bali mu bwakabaka bwa Katonda, naye nga mmwe musuulibbwa ebweru.

Naye bwʼofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, nʼabagongobavu, nʼabalema ne bamuzibe. Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kwʼAbatuukirivu.”

Omu ku bamenyi bʼamateeka abaakomererwa naye nʼavuma Yesu ngʼagamba nti, “Si ggwe Kristo? Kale weerokole era naffe otulokole.” Naye munne bwe baakomererwa nʼamunenya, nʼamugamba nti, “Nʼokutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna kyʼakoze.” Nʼalyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bwʼolijja mu bwakabaka bwo.” Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti Olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”

Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ngʼomuntu azaaliddwa amazzi nʼOmwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.

“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya lyʼOmwana oyo omu yekka owa Katonda. Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa. Naye buli ajja eri omusana akola ebyʼamazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”

Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”

“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, nʼakkiriza eyantuma, aba nʼobulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ngʼatuuse mu bulamu. Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi lyʼOmwana wa Katonda, era nʼabaliwulira baliba balamu. Kubanga nga Kitaawe wʼOmwana bwʼalina obulamu mu ye, bwʼatyo bwe yawa Omwana okuba nʼobulamu mu ye, era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana wʼOmuntu. “Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.

Kubanga Kitange kyʼayagala kye kino nti buli alaba Omwana we nʼamukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olwʼenkomerero.”

Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olwʼenkomerero.

“Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba nʼobulamu obutaggwaawo!

Buli alya omubiri gwange nʼanywa nʼomusaayi gwange, ngʼafunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olwʼenkomerero.

Awo Yesu ne yeeyongera, nʼabagamba nate nti, “Nze ŋŋenda, mulinnoonya, naye mulifiira mu bibi byammwe. Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo.”

Maliza nʼamuddamu nti, “Mmanyi nti Alizuukira ku lunaku olwʼenkomerero.” Yesu nʼamugamba nti, “Nze kuzuukira nʼobulamu; akkiriza nze newaakubadde ngʼafudde, aliba mulamu,

Ekiseera kyʼensi okusalirwa omusango kituuse, era omufuzi wʼensi eno anaagoberwa ebweru.

Kyokka buli agaana Nze era nʼagaana nʼebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olwʼenkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza.

Omuntu bwʼatabeera mu nze asuulibwa ebweru ngʼettabi erikaze. Amatabi ngʼago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya.

Nʼatutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu yʼoyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi wʼabantu bonna, abalamu nʼabafu.

Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bwʼomuntu ku bintu ngʼebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya. Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lwʼalisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.” Awo bwe baawulira Pawulo ngʼayogera ku kuzuukira kwʼabafu, abamu ne bamusekerera, abalala ne bamugamba nti, “Twandiyagadde okwongera okukuwuliriza ku nsonga eyo olulala.”

Era nzikiriza, nga bano bwe bakkiriza, nti Walibaawo okuzuukira kwʼabatuukirivu nʼababi. Olwʼessuubi lino lye nnina, nfuba bulijjo okuba nʼemmeeme ennongoofu eri Katonda nʼeri abantu.”

Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera nʼomutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana. Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, nʼebibi, nʼomululu, nʼobukyayi, nʼobuggya, nʼobussi, nʼentalo, nʼobulimba, nʼenkwe, nʼokwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo, era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala nʼokwekulumbaza, nga bagunjawo enkola yʼebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe. Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira. Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti Abantu abakola ebintu ngʼebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima nʼabo ababikola.

Gwe anenya omuntu omulala, okola ebibi bye bimu ne byʼonenyeza omuntu oyo. Kyonoova olema okubeera nʼekyʼokuwoza, kubanga bwʼokola bwʼotyo, weesalira wekka omusango. Naye kaakano, tumanyi nga Katonda mutuufu okunenya abo abakola ebiri ngʼebyo. Naye ggwe omuntu obuntu, akola ebiri ngʼebyo, kyokka nʼonenya abantu abalala, olowooza nga Katonda alikuleka? Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, nʼokugumiikiriza kwe nʼobukwatampola bwe? Tomanyi ngʼekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya? Naye olwʼobukakanyavu bwo nʼomutima oguteenenya, weeterekera ekiruyi ku lunaku lwʼekiruyi nʼokubikkulirwa, Katonda lwʼalisalirako omusango ogwʼobutuukirivu. Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye. Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi eryʼokuweebwa ekitiibwa, ettendo nʼobulamu obwʼemirembe nʼemirembe. Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu. Walibaawo ennaku nʼokubonaabona ku buli mmeeme yʼomuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya nʼoluvannyuma ku Munnaggwanga. Naye ekitiibwa nʼettendo nʼemirembe biriba ku buli akola ebituufu, okusookera ku Muyudaaya nʼoluvannyuma ku Munnaggwanga. Kubanga Katonda tasosola mu bantu.

Abo bonna abaayonoona olwʼobutamanya mateeka, balizikirira; era nʼabo bonna abaamanya amateeka ne boonoona, bwe batyo bwe balisalirwa omusango, okusinziira mu Mateeka. Kuba abawulira obuwulizi amateeka, si be bejjeerera eri Katonda, wabula abo abakola bye galagira, be baliweebwa obutuukirivu. Abaamawanga abatalina mateeka bwe bakolera mu buzaaliranwa ebintu ebyʼAmateeka, ebintu ebyo byennyini bifuuka amateeka gye bali, newaakubadde ngʼAmateeka tegaabaweebwa. Ekyo kiraga ngʼAmateeka gawandiikibbwa mu mitima gyabwe, era kikakasa munda mu birowoozo byabwe, ngʼemitima gyabwe giribasaliriza omusango oba okubejjeereza okusinziira ku ekyo kye bamanyi. Kino kiribaawo ku lunaku Katonda kwʼaliramulira abantu olwʼebyo bye baakisa, ngʼenjiri yange bwʼeri ku bwa Yesu Kristo.

Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lwʼabo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ngʼensi yonna bwe yasobya.

naye era naffe, abakkiririza mu oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu. Kristo yaweebwayo okuttibwa olwʼebibi byaffe, nʼazuukizibwa tulyoke tuweebwe obutuukirivu.

Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olwʼekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya. Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi ekyʼokufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe.

Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, nʼenkomerero bwe bulamu obutaggwaawo. Empeera yʼekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okwʼomubiri wabula ne bagoberera Omwoyo. Kubanga etteeka eryʼOmwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka lyʼekibi nʼokufa.

abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bwʼayogera Mukama.

Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso gʼentebe ya Katonda, eyʼokulamula. Kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bwʼayogera Mukama, ‘buli vviivi lirinfukaamirira era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ” Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.

Era oyo yʼalibanyweza ku nkomerero, nga temuliiko kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.

Kubanga tewali nʼomu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo. Naye Omuntu bwʼaguzimbisaako ezaabu, effeeza, nʼamayinja agʼomuwendo nʼemiti, nʼessubi, oba ebisasiro; omulimu gwa buli omu gulirabibwa, kubanga omuliro guligwolesa ku lunaku olwo, era omuliro ogwo gwe gulyoreka omulimu gwa buli omu nga bwe guli. Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera. Naye omulimu gwʼomuntu yenna bwe gulyokebwa omuliro, alifiirwa, kyokka ye yennyini alirokolebwa, naye ngʼayita mu muliro.

Noolwekyo temusalanga musango ekiseera nga tekinnatuuka okutuusa Mukama waffe lwʼalijja, alimulisa ebyakwekebwa ebyʼekizikiza, nʼayolesa nʼebigendererwa byʼomutima, buli muntu nʼalyoka atendebwa Katonda.

Oba temumanyi ngʼabatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ngʼabakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga, newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo nʼOmwoyo wa Katonda waffe.

Naye singa tusooka okwekebera, tetwandisaliddwa musango kutusinga.

Kyokka ddala Kristo yazuukizibwa mu bafu, era bye bibala ebibereberye ebyʼabo abaafa. Kuba ngʼokufa bwe kwaleetebwa omuntu, era nʼokuzuukira kwʼabafu kwaleetebwa muntu. Kuba ngʼabantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo. Kyokka buli omu mu luwalo lwe, Kristo ye yasooka era bwʼalijja ababe ne baddako, olwo enkomerero nʼeryoka etuuka, Kristo nʼakwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ngʼamaze okuzikiriza obufuzi bwonna, nʼobuyinza bwonna era nʼamaanyi gonna. Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bwʼalissa abalabe be bonna wansi wʼebigere bye. Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa. Kubanga yassa ebintu byonna wansi wʼebigere bye. Naye bwʼagamba nti ebintu byonna biri wansi we, kitegeeza nti aggyeko oli eyʼamusobozesa okufuga ebintu byonna. Katonda bwʼalimala okussa byonna mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Omwana we, nʼalyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda nʼalyoka afugira ddala byonna.

Era bwe kiri mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, ne guzuukizibwa nga si gwa kuvunda. Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo. Kale obanga waliwo omubiri obubiri, era waliwo omubiri ogwʼomwoyo, kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ngʼalina obulamu.” Kyokka Adamu owʼoluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu. Naye ekyʼomwoyo si kye kyasooka, wabula ekyʼomubiri obubiri kye kyasooka, nʼoluvannyuma ekyʼomwoyo ne kijja. Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu. Ngʼeyakolebwa mu nfuufu bwʼali, nʼabo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. Era nga bwe tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tulifaanana oyo eyava mu ggulu.

Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti Omubiri guno ogwʼoku nsi, ogwʼennyama nʼomusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera. Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe eyʼenkomerero bwʼerivuga ffenna tulifuusibwa mu kaseera katono ngʼokutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, nʼabafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa. Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa. Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.”

Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso gʼentebe ya Kristo eyʼokusalirako omusango, buli muntu asalirwe olwʼebyo bye yakola ngʼakyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi. Noolwekyo bwe tumanya entiisa ya Katonda, kyetuva tukola obutaweera okuleeta abantu eri Kristo, era kye tuli kimanyiddwa eri Katonda, era nsuubira nga bwe kiri ne mu mitima gyammwe.

Kubanga kye ntya oboolyawo kwe kubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; oboolyawo nga waliwo okuyomba, nʼobuggya, nʼobusungu, nʼokwawukana, nʼokugeyaŋŋana, nʼolugambo, nʼokwekuluntaza, nʼokutabukatabuka; bwe ndijja nate, Katonda wange aleme kuntoowaza mu maaso gammwe, ne nkaabira abo bonna abaayonoona edda, ne bateenenya obutali bulongoofu, nʼobwenzi, nʼobugwagwa bye baakola.

Ebikolwa byʼomubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, nʼebirala ebiri ngʼebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti Buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu kyʼasiga era kyʼalikungula. Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.

Mu oyo mwe tununulibwa olwʼomusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ngʼobugagga bwʼekisa kye bwe buli,

Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, nʼobugwagwa bwonna, nʼomululu bireme okuwulirwa mu mmwe. Mwewale okwogera ebyʼensonyi, nʼebyʼobusirusiru, nʼokubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda. Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. Omuntu yenna tabalimbalimbanga nʼebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera.

Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi gʼokuzuukira kwe, nga nsuubira nga nange ndizuukira.

Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. Kale bwʼalijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ngʼogugwe ogwʼekitiibwa, ngʼakozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.

Katonda eyatuwonya nʼatuggya mu maanyi gʼekizikiza aga Setaani, nʼatutwala mu bwakabaka bwʼOmwana we omwagalwa, atusonyiwa ebibi byaffe, nʼatufuula ba ddembe.

Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olwʼokufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa. Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi eryʼEnjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.

Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe ebyʼomubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, nʼobutali bulongoofu, nʼobukaba, nʼokwegomba okwʼensonyi, nʼokuyaayaana; kye kimu nʼokusinza bakatonda abalala. Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana abʼobujeemu abakola ebintu ebyo, ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, nʼekiruyi, nʼettima, nʼokuvvoola, nʼokunyumya emboozi eyʼensonyi. Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu owʼedda nʼebikolwa bye,

kubanga ayonoona, alisasulwa olwʼebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bwʼalikomawo nʼabatukuvu be bonna.

Katonda owʼemirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, nʼemmeeme yammwe nʼomubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olwʼokujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.

Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera, ate ngʼabo ababanyigiriza alibabonereza nga bwe kibagwanidde. Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bwʼaliva mu ggulu, ne bamalayika be abʼamaanyi, mu muliro ogwaka, nʼabonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu. Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe nʼemirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, nʼekitiibwa kyʼamaanyi ge. Bwʼalijja okugulumizibwa mu batukuvu be ku lunaku luli abo bonna abamukkiriza balyewuunya kubanga mwakkiriza bye twabategeeza ku ye.

Tumanyi ngʼamateeka malungi, omuntu bwʼagakozesa mu ngeri entuufu. Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, nʼabatatya Katonda, nʼabatali batukuvu, nʼabagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era nʼabatta abantu abalala, nʼabenzi, nʼabalya ebisiyaga, abagula nʼabatunda abaddu, abalimba nʼabalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu, ngʼEnjiri eyʼekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bwʼeri.

Ebyo bibalagire, baleme kubaako kya kunenyezebwa.

Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu.

okuumenga ekiragiro nga tekiriiko bbala, wadde ekyʼokunenyezebwa okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo,

Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti: “Obanga twafiira wamu naye, era tulibeera balamu wamu naye. Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Obanga tumwegaana era naye alitwegaana.

Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu nʼabafu omusango, era nʼolwʼokujja kwe, nʼolwʼobwakabaka bwe,

Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange ekyʼokuva ku nsi kituuse. Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange. Kye nsigazza kwe kufuna engule eyʼobutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gyʼalimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa nʼabo bonna abeegomba okujja kwe.

Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si ku lwa nga tuwaba ne tubivaako. Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era nʼajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira, ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira.

Ngʼabantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu nʼoluvannyuma okulamulwa ne kutuuka,

Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gyʼebyawandiikibwa: Nzize okukola byʼoyagala, ngʼEbyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”

era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ngʼabamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lwʼokudda kwa Mukama waffe lusembedde. Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olwʼekibi. Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogwʼekibonerezo ekyʼomuliro ogwʼamaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda.

Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama yʼaliramula abantu be.” Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!

Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne mu kibuga kya Katonda omulamu, mu Yerusaalemi ekyʼomu ggulu nʼeri enkumi nʼenkumi ezʼabamalayika abakuŋŋaanye, nʼeri ekkanisa eyʼabo abaasooka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu ggulu, nʼeri Katonda Omulamuzi wa bonna, nʼeri emyoyo egyʼabantu abaatukirizibwa,

Obufumbo mubussangamu ekitiibwa nʼebirayiro byabwo, kubanga abakaba nʼabenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.

Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obwʼomwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala.

Abantu abo baliwoza mu maaso ga Katonda. Kubanga yeeteeseteese okulamula abalamu nʼabafu ngʼasinziira ku ebyo bye baakola. Enjiri kyeyava ebuulirwa, nʼabafu balyoke basalirwe omusango ngʼabantu abalala bonna, kyokka babe balamu mu mwoyo nga Katonda bwʼali. Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda.

Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ngʼatandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?

Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olwʼokusalirwako omusango.

Mukama amanyi okuwonya nʼokuggya mu kugezesebwa abamutya, nʼabonereza abatali bakkiriza okutuusa ku lunaku olwʼokusalirako omusango, nʼokusingira ddala abo abagoberera okwegomba kwabwe okwʼomubiri ne banyooma abakulembeze baabwe. Tebaliiko kye batya, beerowoozaako bokka, era tebakwatibwa na nsonyi kuvuma baakitiibwa. Kyokka bo bamalayika newaakubadde be basinga abayigiriza abo amaanyi nʼobuyinza, bwe batwala ensonga ezo eri Mukama waffe tebakozesa lulimi luvuma. Abantu bali bavuma ne bye batategeera, bali ngʼensolo obusolo ezitaliimu magezi ezikwatibwa okuttibwa ne zizikirizibwa; era nabo okufaanana ngʼensolo ezo, bagenda kuzikirizibwa. Abantu abo bagenda kubonerezebwa olwʼebibi bye bakola. Kubanga buli lunaku bagoberera okwegomba kwabwe olwʼokwesanyusa, era abantu abo bakwasa mmwe ensonyi era babaswaza bwe beegatta nammwe mu mbaga zammwe, nga bakola effujjo mu masanyu gaabwe. Balina amaaso agajjude obukaba, tebalekaayo kukola kibi buli kiseera boonoona era basendasenda abatali banywevu, bajjudde omululu. Baana abaakolimirwa, abaakyama ne bava mu kkubo okufaanana nga Balamu mutabani wa Beyoli, eyayagala empeera eyʼobutali butuukirivu. Kyokka endogoyi etayogera, Katonda bwe yagyogeza nʼemumanya olwʼobujeemu bwe nʼeziyiza eddalu lya nnabbi oyo. Abantu abo nzizi ezitaliimu mazzi. Bali ngʼebire ebitwalibwa embuyaga, era baterekeddwa ekifo ekyʼekizikiza ekikutte be zigizigi.

Era olwʼekigambo ekyo, eggulu nʼensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olwʼokusalirako omusango, nʼokuzikirizibwa kwʼabo abatatya Katonda. Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ngʼolunaku olumu, era nʼolunaku olumu luli ngʼemyaka olukumi. Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ngʼabamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.

Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ngʼomubbi bwʼajja nga tewali nʼomu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, nʼebiririko birizikirizibwa nʼomuliro, era ensi nʼebintu ebigirimu birisirikka. Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda, nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna bwe buryokebwa ne buzikirizirwa nʼebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka. Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya nʼensi empya omuli obutuukirivu.

Kale, abaagalwa, nga bwe mulindirira ebintu ebyo okubaawo mufubenga nnyo okuba abalongoofu abataliiko kya kunenyezebwa nga mulina emirembe.

Mulabe okwagala Katonda kwʼatwagala bwe kuli okunene ennyo, nʼatuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera. Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bwʼalirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bwʼali.

Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa. Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye.

Bwe twagala bannaffe nga Kristo bwe yakola ngʼali mu nsi muno, tetulibaako kye tweraliikirira ku lunaku olwʼokusalirako omusango.

Era buno bwe bujulirwa nti: “Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu buno buli mu Mwana we.” Buli alina Omwana alina obulamu, naye oyo atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.

ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira nʼebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere nʼabassa mu kkomera eryʼekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango. Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola nʼebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi nʼobwenzi, nga nʼabasajja bakolaganako ebyʼensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa nʼomuliro, era byabonerezebwa nʼomuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli.

oba ngʼamayengo agʼoku nnyanja agasiikuuse, ebikolwa byabwe ne bibaswaza; oba ngʼemmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo ekyʼolubeerera.

Alireeta abantu bonna mu maaso ge basalirwe omusango mu bwenkanya olwʼebikolwa byabwe bonna abatatya Katonda, bye baakola mu bugenderevu, nʼolwʼebigambo byonna ebizibu abakozi bʼebibi bye bamwogeddeko ebyʼobutatya Katonda.”

Mubeerenga ba kisa eri abo ababuusabuusa mu kukkiriza, nʼabalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi zʼomuliro, nʼabalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ngʼaboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe. Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu kkubo lye, era nʼokubatuusa mu maaso ge agʼekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu;

Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ngʼafudde, kyokka ye nʼanteekako omukono gwe ogwa ddyo nʼaŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero, era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo ebyʼokufa nʼamagombe.

Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogwʼobulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.”

Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.”

Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo kyʼobulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti Oyo muntu wange.

Buli awangula ndimukkiriza okutuula ngʼanninaanye, ku ntebe yange eyʼobwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye.

Ne bakaabirira Mukama nʼeddoboozi eryʼomwanguka nga bagamba nti, “Ayi Mukama, Omutukuvu era owʼamazima, onoosalira ddi abantu bʼensi omusango, nʼowoolera eggwanga olwʼomusaayi gwaffe?”

Awo malayika owʼomusanvu nʼafuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti, “Obwakabaka bwʼensi eno kati bufuuse bwa Mukama waffe ne Kristo we, era anaafuganga emirembe nʼemirembe.”

“Amawanga gaakunyiigira, naye kaakano naawe kyʼekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo era kyʼekiseera okusalira abo abaafa omusango, nʼokuwa empeera abaweereza bo bannabbi, nʼabatukuvu bo, nʼabo abatya erinnya lyo abakulu nʼabato, nʼokuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.” Awo Yeekaalu ya Katonda eyʼomu ggulu nʼeggulwawo, nʼessanduuko eyʼendagaano nʼerabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa nʼokubwatuka kwʼeggulu nʼomuzira omungi ogwʼamaanyi era ensi yonna nʼekankanyizibwa musisi owʼamaanyi ennyo.

Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa.

Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja, nʼensulo zʼamazzi zonna.”

oyo alinywa ku mwenge gwʼobusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe ekyʼobusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa nʼomuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga. Omukka gwʼokubonaabona kwabwe gunyooka emirembe nʼemirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana nʼekiro abo abaasinza ekisolo nʼekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza nʼokuteekebwako akabonero akʼerinnya lyakyo.

Ne mpulira malayika eyakola ku mazzi ngʼayogera nti, “Oli mutuukirivu, Ayi ggwe Omutukuvu, aliwo era eyaliwo, kubanga bwʼotyo bwe wasala omusango. Olwʼokubanga baayiwa omusaayi gwʼabatukuvu ne bannabbi, ogwo gwe musaayi gwʼobawadde okunywa.” Awo ne mpulira ekyoto ngʼakyogera nti, “Weewaawo Mukama Katonda Ayinzabyonna, ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.”

Oluvannyuma lwʼebyo ne mpulira oluyoogaano lwʼabantu abangi mu ggulu nga bagamba nti, “Aleruuya! Obulokozi nʼekitiibwa nʼamaanyi bya Katonda waffe. Kubanga ensala ye eyʼemisango ya mazima era ya butuukirivu. Yabonereza malaaya omukulu eyayonoona ensi nʼobwenzi bwe. Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olwʼomusaayi gwʼabaweereza be.” Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Aleruuya! Omukka ogwʼokwokebwa kwe nʼomuliro, gunyooka emirembe nʼemirembe!”

Malayika nʼaŋŋamba nti, “Wandiika nti Balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo kyʼembaga eyʼobugole eyʼOmwana gwʼEndiga.” Nʼayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.”

Ne ndaba eggulu nga libikkuse era laba embalaasi enjeru ngʼagyebagadde ayitibwa Omwesigwa era Owʼamazima, asala omusango mu butuukirivu era mulwanyi wa kitalo mu ntalo.

Awo ne ndaba entebe ezʼobwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gyʼabo abaatemebwako emitwe olwʼokunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi. Naye abafu abalala tebaazuukira okutuusa ngʼemyaka olukumi giweddeko. Kuno kwe kuzuukira okusooka.

Awo ne ndaba entebe eyʼobwakabaka enjeru nʼOyo eyali agituddeko. Ensi nʼebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. Ne ndaba abafu abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, nʼekitabo ekirala kyʼekitabo ekyʼobulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ngʼebikolwa bye bwe byali. Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, nʼokufa nʼAmagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu nʼasalirwa omusango, ngʼebikolwa bye bwe byali. Okufa nʼAmagombe ne bisuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro, kuno kwe kufa okwokubiri. Era buli eyasangibwa ngʼerinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo ekyʼobulamu, nʼasuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro.

Awo ne ndaba eggulu eriggya nʼensi empya. Eggulu eryasooka nʼensi eyasooka byali biweddewo nga nʼennyanja tekyaliwo. Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ngʼomugole bwʼabeera ku mbaga eyʼobugole bwe, ngʼayonjereddwa bbaawe. Ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka nga lyogera okuva mu ntebe eyʼobwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”

Oyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka nʼagamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era nʼaŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!” Nʼaŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ezʼamazzi amalamu, agʼobuwa. Buli awangula alifuna ebyo byonna ngʼomugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange. Naye abo ababi nʼabatakkiriza nʼabagwagwa, nʼabassi, nʼabenzi, nʼabalogo nʼabasinza ebifaananyi, nʼabalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja eyʼomuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo ekyʼobulamu ekyʼOmwana gwʼEndiga.

Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era nʼomugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, nʼabatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu. “Laba, nzija mangu nsasule buli omu ngʼebikolwa bye bwe biri.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net