16 – Emmere Esaddaakibwa Emisambwa

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Emmere Esaddaakibwa Emisambwa.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni musse kimu nabo. Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni. Oba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi?

Kubanga ggwe amanyi, singa omunafu mu kukkiriza akulaba ngʼolya mu ssabo lya bakatonda abalala, ekyo tekirimugumya okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala. Kale owooluganda oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, azikirizibwe olwʼokumanya kwo! Noolwekyo bwe mukola ekibi ku booluganda muba muleeta ekiwundu ku mwoyo gwabwe kubanga banafu, era muba mukola kibi eri Kristo. Kale obanga kye ndya kyesittaza muganda wange, siryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.

Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ngʼabayigiriza obwenzi nʼokulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 67 ebitundu

Awo Yakobo nʼagamba abʼomu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe,

“Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.” “Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana nʼekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi wʼensi. Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olwʼebibi bya bakitaabwe nʼebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna ogwʼabo abankyawa.

“Weegenderezanga nʼokolanga byonna bye nkulagidde. Bakatonda abalala toboogerangako, era amannya gaabwe tegayitanga mu kamwa ko.

Olimenyaamenya ebyoto byabwe, obetente empagi zaabwe, nʼotemaatema ebifaananyi byabwe ebibajje bye basinza. Tosinzanga katonda mulala yenna, kubanga Nze Mukama, ayitibwa Waabuggya, ndi Katonda wa buggya. “Temukolanga ndagaano eyʼokukolagana nʼabatuuze bʼomu nsi omwo. Kubanga bwe baliba bagoberera bakatonda baabwe, nga bawaayo ssaddaaka, gamba omu ku bo nʼabayita, mulirya ku biweebwayo byabwe ebyo. Era bwe muliwasiza batabani bammwe abamu ku bawala baabwe, abawala abo ne bagoberera bakatonda baabwe, balireetera batabani bammwe nabo okukola bwe batyo.

“Temulaganga mu bitali Katonda, era temwekoleranga bakatonda abaweese mu kyuma ekisaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe.

“Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.” “Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana nʼekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi wʼensi. Ebyo tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga Nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olwʼebibi bya bakitaabwe nʼebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna ogwʼabo abankyawa.

Mukama Katonda wo ngʼamaze okugagabula mu mukono gwo, ngʼobawangudde, kikugwanira obazikiririze ddala. Tokolanga nabo ndagaano, so tobakwatirwanga kisa. Tofumbiriganwanga nabo. Towangayo muwala wo kufumbirwanga mutabani we, oba mutabani we okuwasanga muwala wo. Kubanga bagenda kukyamya mutabani wo alekerengaawo okugoberera Mukama, baweerezenga bakatonda abalala; era obusungu bwa Mukama bunaababuubuukirangako nʼakuzikiriza mangu. Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro.

Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga mu muliro. Teweegombanga zaabu na ffeeza anaabibeerangako. So tomwetwaliranga alemenga kukufuukira mutego; kubanga ekikolwa ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo. Toyingizanga mu nnyumba yo kintu kyonna ekyomuzizo, olemenga kuba mukolimire ngʼekintu ekyo bwe kiri. Onookikyayiranga ddala era onookitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa.

“Bwe kanaakutandanga ne weerabiranga Mukama Katonda wo, nʼogobereranga bakatonda abalala, nʼobasinzanga nʼobavuunamiranga, mbategeeza mmwe leero nti Ddala ddala mugenda kuzikirira. Nga bwe mulaba amawanga Mukama gʼazikiriza mu maaso gammwe, nammwe bwe mulizikirira bwe mutyo, bwe mutaligonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.”

Kibagwanidde okunyiikiranga okukolanga buli kintu kye mbalagira, tokyongerangako wadde okukikendeezangako.

Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala. Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda, eri bakatonda be batamanyangako, bakatonda abaggya abaali baakatuuka bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.

Naye Samwiri nʼamugamba nti, “Mukama asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, okusinga okugondera eddoboozi lya Mukama? Okugonda kusinga ssaddaaka, era nʼokuwuliriza kusinga amasavu gʼendiga ennume. Kubanga obujeemu buli ngʼekibi ekyʼokusamira, era nʼobukakanyavu buli ngʼekibi ekyʼokusinza bakatonda abalala. Kubanga ojeemedde ekigambo kya Mukama, naye akugaanye okuba kabaka.”

Ne bafulumya empagi ezaali mu ssabo lya Baali, ne bazookya. Ne bamenyaamenya empagi ya Baali, ne bamenyaamenya ne ssabo lya Baali, ne balifuula kabuyonjo ne leero.

Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa; era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna. Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi, naye Mukama ye yakola eggulu.

Nʼawangayo ssaddaaka eri bakatonda bʼe Ddamasiko, abaali bamuwangudde, kubanga yalowooza nti, “Engeri bakatonda ba bakabaka bʼe Busuuli bwe babayambye, nnaawaayo ssaddaaka gye bali, nange bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe nʼokwa Isirayiri yenna.

Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa; asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna. Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi; naye Mukama ye yakola eggulu.

Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu, ebikolebwa nʼengalo zʼabantu, Birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba. Birina amatu, naye tebiwulira; birina ennyindo, naye tebiwunyiriza. Birina engalo, naye tebikwata; birina ebigere, naye tebitambula; ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi nʼakamu, abakozi ababikola, nʼabo bonna ababyesiga balibifaanana.

Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza, ebyakolebwa nʼemikono gyʼabantu mu ffeeza ne zaabu, birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba; birina amatu naye tebiwulira; so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka. Ababikola balibifaanana; na buli abyesiga alibifaanana.

Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.

ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo za bantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza.

“Nze Mukama, eryo lye linnya lyange, nʼekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.

Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti, ‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi, era baligobebwa, mu buswavu obungi.”

Era ndibonereza abantu bange olwʼebibi byabwe byonna, kubanga banvaako ne booteeza obubaane eri bakatonda abalala, era ne basinza ebibajje bye beekolera nʼemikono gyabwe.

Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka wʼeggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu. Naye nze gwe balumya?” bwʼayogera Mukama. “Tebeerumya bokka, ne beeswazaswaza?” Noolwekyo bwʼatyo bwʼayogera Mukama nti, “Laba obusungu bwange nʼekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egyʼomu ttale era ne ku bibala ebyʼomu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.”

Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera; buli muweesi wa zaabu aswala olwʼekifaananyi kyʼakoze. Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba, era tebiriimu bulamu. Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.

Ogambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi, bwʼatyo bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Muwulirize! Ndireeta ekikangabwa mu kifo kino ekiriwaawaaza buli kutu. Kubanga banvuddeko ekifo kino ne bakifuula ekya bakatonda abalala. Bookerezaamu ebiweebwayo eri bakatonda, bakitaabwe wadde bakabaka ba Yuda be batamanyangako, nga bajjuzza ekifo kino omusaayi gwʼabataliiko musango.

Amayumba gʼomu Yerusaalemi nʼaga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ngʼago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda abʼomu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’ ”

Awo abasajja bonna abaali bamanyi nga bakazi baabwe baali bootereza bakatonda abalala obubaane, nʼabakazi abalala abaaliwo, olukuŋŋaana nga lunene nʼabantu bonna abaali babeera mu Misiri e Pasuloosi, ne baddamu Yeremiya nga boogera nti, “Tetujja kuwulira bubaka bwʼoyogedde naffe mu linnya lya Mukama! Tujja kukola byonna bye twagambye okukola. Tujja kwotereza kabaka omukazi owʼeggulu obubaane, tuweeyo nʼebiweebwayo ebyokunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bakitaffe, ne bakabaka baffe nʼabakungu baffe mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo zʼe Yerusaalemi. Mu biseera ebyo twalina emmere nnyingi era nga tuli bulungi nga tetutuukibwako kabi. Naye okuva lwe twalekeraawo okwotereza kabaka omukazi owʼeggulu obubaane, nʼokumuwa ekiweebwayo ekyokunywa, tetubadde na kantu konna era tubadde tuzikirira nʼekitala nʼenjala.” Abakazi ne bongerako nti, “Bwe twayotereza kabaka omukazi owʼeggulu obubaane ne tumuwa nʼekiweebwayo ekyokunywa, abaami baffe tebaamanya nti twali tumukolera obugaati obuliko ekifaananyi kye ne tumuwa nʼekiweebwayo ekyokunywa?”

Mukama nga takyayinza kugumiikiriza bikolwa byammwe bibi nʼebyʼemizizo bye mwakola, ensi yammwe kyeyava efuuka ekikolimo nʼekyenyinyalwa era eteriimu bantu, nga bweri leero. Kubanga mwotereza obubaane abalala era ne mukola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda ne mutamugondera wadde okugoberera amateeka ge oba ebiragiro bye oba bye yategeeza, emitawaana gibagidde nga kaakano bwe mulabye.”

“Buli muntu talina magezi wadde okutegeera; Buli muweesi aswadde olwʼebifaananyi bya bakatonda byʼakoze nʼemikono gye. Ebifaananyi bye bya bulimba; tebirina mukka. Tebigasa, bintu bya kuzannyazannya; omusango gwabwe bwe gunajja, bajja kuzikirira.

Weegulumizizza eri Mukama wʼeggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, nʼabakungu bo, nʼabakyala bo, nʼabazaana bo mubinywereddemu omwenge, nʼoluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, nʼaba zaabu, nʼabʼebikomo, nʼabʼebyuma, nʼabʼemiti, nʼabamayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza.

Balonda bakabaka nga sikkirizza, balonda abakulembeze be sikakasizza. Beekolera ebifaananyi ebyole mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.

Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri, nabo gye beeyongeranga okusemberayo ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.

“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi. Oba ekifaananyi ekyʼekyuma, ekisomesa obulimba? Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye nga akola ebifaananyi ebitayogera!

“Temulowooza nti Najja okuggyawo amateeka ga Musa oba ebya bannabbi. Sajja okubiggyawo wabula okubituukiriza. Ddala ddala mbagamba nti Eggulu nʼensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira. Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, nʼayigiriza nʼabalala okukola bwe batyo, yʼalisembayo mu bwakabaka obwʼomu ggulu.

Nʼabaddamu nti, “Nammwe temutegedde? Temutegeera nti Buli kintu ekiyingira mu muntu si kye kimwonoona? Olwʼokuba nga tekiyingira mu mutima gwe naye kiyingira mu lubuto lwe ne kiryoka kigenda mu kabuyonjo.” Mu kwogera atyo Yesu yakakasa nga buli kyakulya bwe kiri ekirongoofu.

Omuntu omwesigwa mu kintu ekitono, abeera mwesigwa ne mu kinene; nʼoyo ataba mwesigwa mu kitono era ne mu kinene taba mwesigwa.

“Tewali muddu ayinza kuweereza bakulu babiri. Kubanga alikyawako omu nʼayagala omulala, oba aliwulirako omu nʼanyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”

Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru wʼekibuga, nʼagenda nʼaleeta ente ennume nʼebimuli ku wankaaki, ye nʼekibiina kyʼabantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka. Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina kyʼabantu nga baleekaana nga bagamba nti, “Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja nʼebintu byonna ebirimu.

Wabula tubawandiikire tubategeeze beewale okulya ennyama eya ssaddaaka eweebwayo eri bakatonda abalala, beewale obwenzi nʼokulya ennyama eyʼebisolo ebitugiddwa, era beewale okulya nʼomusaayi.

Kubanga kwe kuteesa kwa Mwoyo Mutukuvu, era naffe, nga tekisaanira kubatikka migugu gya bwereere egiteetaagibwa, wabula musaana okugoberera bino: Mwewalenga ennyama ettiddwa olwʼokuweebwayo eri bakatonda abalala, mwewalenga nʼokulya omusaayi, era nʼennyama eyʼebisolo ebitugiddwa, era mwewalenga obwenzi. Bwe muneegendereza ne mwewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi. Mweraba.”

Ebbanga Pawulo lye yamala ngʼalinda Siira ne Timoseewo mu Asene, nʼalumwa nnyo mu mutima bwe yalaba ngʼekibuga kijjudde bakatonda abalala.

“Obanga kino kya mazima nti Tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ngʼekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja. Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bwʼomuntu ku bintu ngʼebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya. Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lwʼalisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”

Ku nsonga zʼAbamawanga abakkiriza, twabawandikira nga tubagamba baleme kugoberera bulombolombo bwa Kiyudaaya nʼakatono wabula ebyo bye twassa mu bbaluwa yaffe era bye bino; obutalya nnyama ya bisolo ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, nʼobutalya ebitugiddwa oba okulya omusaayi, era nʼokwewala obwenzi.” Ku lunaku olwaddirira Pawulo nʼatwala abasajja okwerongoosa, naye ne yeerongoosa nabo. Nʼayingira mu Yeekaalu okutegeera olunaku ekiseera kyʼokwerongoosa ekyʼennaku omusanvu we kiriggweerako, olwo buli omu alyoke atwaleyo ekiweebwayo kye.

Beeyita abʼamagezi ne bafuuka abasirusiru, ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi kyʼomuntu aggwaawo, nʼekyʼebinyonyi, nʼekyʼebirina amagulu ana nʼekyʼebyewalula.

Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango. Wabaawo omuntu omu akkiririza mu kulya ebintu byonna, nga so ye omunafu akoma ku nva kwokka.

Oba temumanyi ngʼomubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era nʼemibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.

Kale ku nsonga eyʼokuwaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala: tumanyi nti byonna tubitegeera. Naye okwerowooza nti Tumanyi kuleeta okwekuluntaza naye okwagala kuzimba. Omuntu alowooza nti Amanyi, aba alaga nga bwʼatannamanya era nga bwe kimugwanira okumanya. Naye oyo ayagala Katonda amanyibwa Katonda.

Kale ku nsonga eno eyʼokulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, tumanyi bakatonda abalala bwe bataliimu nsa. Era tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, tewali mulala. Waliwo abayitibwa bakatonda abali mu ggulu ne ku nsi newaakubadde nga waliwo bakatonda bangi nʼabaami bangi. Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.

Kyokka kino abamu tebakimanyi. Obulamu bwabwe bwonna bwamanyiira okulowooza nti bakatonda abalala balamu ddala, era nga nʼebiweebwayo ebyo biweebwayo eri bakatonda ddala. Kaakano bwe balya emmere eyo eyonoona emyoyo gyabwe, kuba minafu, beeyonoona bokka. Naye emmere si yeetuleetera okusiimibwa Katonda. Bwe tutagirya tewaba kye tusubwa, era ne bwe tugirya terina kye twongerako. Kyokka mwegendereze bwe muba mukozesa eddembe lyabwe eryo, si kulwa nga mwesittaza abo abanafu mu kukkiriza. Kubanga ggwe amanyi, singa omunafu mu kukkiriza akulaba ngʼolya mu ssabo lya bakatonda abalala, ekyo tekirimugumya okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala. Kale owooluganda oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, azikirizibwe olwʼokumanya kwo! Noolwekyo bwe mukola ekibi ku booluganda muba muleeta ekiwundu ku mwoyo gwabwe kubanga banafu, era muba mukola kibi eri Kristo. Kale obanga kye ndya kyesittaza muganda wange, siryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.

Noolwekyo, mikwano gyange, muddukenga okusinza bakatonda abalala. Muli bantu abategeera. Kale, mulabe obanga kye njogera kye kikyo.

Mulabe Isirayiri owʼomubiri, abalya ssaddaaka tebassa kimu na Kyoto? Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti Ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso? Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni musse kimu nabo. Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni. Oba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi?

Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba. Omuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne. Mwegulire ennyama eya buli ngeri gye batunda mu katale mulye, awatali kusooka kwebuuza olwʼomwoyo gwammwe. Kubanga ensi ya Mukama nʼokujjula kwayo. Singa omu ku batali bakkiriza abayita ku kijjulo, ne mwagala okugenda, kale mulyenga kyonna kye banaabagabulanga nga temuliiko kye mubuuzizza olwʼobulungi bwʼomwoyo gwammwe. Kyokka omuntu yenna bwʼabategeezanga nti, “Kino kyaweereddwayo eri bakatonda abalala,” temukiryanga olwʼoyo abategeezezza nʼolwʼobulungi bwʼomwoyo gwammwe, bwe njogera bwe ntyo, njogera ku mwoyo gwe so si ogwʼoli omulala. Kubanga lwaki eddembe lyange lisalirwa omusango omwoyo gwʼomulala? Bwe ndya nga neebazizza, lwaki nnenyezebwa olwʼekyo kye ndya nga neebazizza?

Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda. Temukolanga ekyo ekineesittaza Abayudaaya oba Abayonaani wadde abʼekkanisa ya Katonda. Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bwʼabalala balyoke balokolebwe.

Temwegattanga wamu nʼabatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati wʼobutuukirivu nʼobujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati wʼekitangaala nʼekizikiza? Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gwʼalina nʼatali mukkiriza? Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti, “Nnaabeeranga mu bo era natambuliranga mu bo, nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.” “Noolwekyo muve wakati mu bo, mubeeyawuleko, bwʼayogera Mukama. Temukwata ku bitali birongoofu, nange nnaabaaniriza.”

Noolwekyo waleme kubaawo muntu nʼomu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olwʼembaga zʼEkiyudaaya oba ezʼomwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti. Kubanga ebyo kisiikirize ekyʼebyo ebyali bigenda okujja, naye ekirimu ensa ye Kristo.

Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi agʼebintu ebyangu ebyʼensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ngʼabʼomu nsi? Bino bye bimu ku biragiro abʼomu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti Tokomba ku kino. Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso. Birabika ngʼebyʼamagezi mu ngeri eyʼokusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa nʼakatono mu kufuga okwegomba kwʼomubiri.

Kubanga bo bennyini batubuulira engeri gye mwatwanirizaamu, ne bwe mwakyuka okuleka bakatonda abalala ne mudda eri Katonda omulamu era owʼamazima,

Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti Mu nnaku ezʼoluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, nʼenjigiriza ya baddayimooni, nga bawubisibwa obukuusa bwʼabantu abalimba, abʼemitima egiri ngʼegyasiriizibwa ekyuma ekyengeredde. Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era abagaana okulya ebyokulya ebimu Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza. Kubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza, kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda, nʼokukisabira.

Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba. Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye nʼatakigondera, afaanana ngʼomuntu eyeeraba mu ndabirwamu; bwʼava mu ndabirwamu, amangwago ne yeerabira nga bwʼafaananye.

Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu.

Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.

Buli asukka ku ebyo Kristo byʼayigiriza nʼatabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe nʼOmwana. Omuntu yenna bwʼajja gye muli, nʼatayigiriza bwʼatyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, nʼokulamusa temumulamusanga. Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.

Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo abʼenjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego nʼabaliisa ennyama eyʼomuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era nʼokwenda.

Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ngʼabayigiriza obwenzi nʼokulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala. Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe. Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era nʼabo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obwʼamaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti Nkebera emitima nʼebirowoozo era ndibasasula ngʼebikolwa byabwe bwe biri.

Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lwʼebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni nʼebifaananyi ebyakolebwa nʼemikono ebya zaabu nʼebya ffeeza, nʼebyʼebikomo, nʼebyʼamayinja nʼomuti, ebitalaba yadde okuwulira so nʼokutambula tebitambula.

Naye abo ababi nʼabatakkiriza nʼabagwagwa, nʼabassi, nʼabenzi, nʼabalogo nʼabasinza ebifaananyi, nʼabalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja eyʼomuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net