17 – Ddiini ez’obulimba

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Ddiini ez’obulimba.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu, ebikolebwa nʼengalo zʼabantu, Birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba. Birina amatu, naye tebiwulira; birina ennyindo, naye tebiwunyiriza. Birina engalo, naye tebikwata; birina ebigere, naye tebitambula; ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi nʼakamu, abakozi ababikola, nʼabo bonna ababyesiga balibifaanana.

“Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.” “Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana nʼekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi wʼensi. Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olwʼebibi bya bakitaabwe nʼebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna ogwʼabo abankyawa.

“ ‘Omusajja oba omukazi mu mmwe anaabeeranga omusamize oba omulogo, wa kuttibwanga. Mubakubanga amayinja; era omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.’ ”

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 176 ebitundu

Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ezʼomu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti ‘Temulyanga ku muti gwonna ogwʼomu nnimiro!’”

Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omwala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.” Naye Katonda nakka okulaba ekibuga nʼomunaala, abaana bʼabantu kye baali bazimba. Mukama nʼayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa eyʼebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.” Bwʼatyo Mukama nʼabasaasaanya ne babuna ensi yonna, nʼekibuga kyabwe ne batakimaliriza. Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lwʼensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.

Ate malayika wa Mukama nʼamugamba nti, “Laba, olina omwana mu nda yo, aliba wabulenzi, olimutuuma Isimayiri, kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo. Aliba ngʼentulege, anaalwananga na buli muntu era na buli muntu anaalwananga naye, era anaabanga mu bulabe ne baganda be.”

Ibulayimu nʼagamba Katonda nti, “Isimayiri abeerenga mulamu mu maaso go!” Katonda nʼamugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo. Ku Isimayiri nkuwulidde: Laba, ndimuwa omukisa, alyeyongera, ndimwaliza ddala nnyo, aliba jjajja wʼabalangira kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga eryʼamaanyi. Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gwʼalikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.”

Awo Ibulayimu nʼatwala Isimayiri mutabani we nʼabaddu bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye nʼabo abaagulibwa nʼensimbi ze, buli musajja yenna mu nnyumba ya Ibulayimu nʼakomolwa buli omu ekikuta kyʼomubiri gwe ku lunaku olwo lwennyini, nga Katonda bwe yamugamba.

Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni nʼasuula omuggo gwe wansi awali Falaawo nʼabaweereza be, ne gufuuka omusota. Falaawo naye nʼatumya basajja be abagezigezi, nʼabalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe agʼekyama. Kubanga nabo baasuula wansi emiggo gyabwe, ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe. Naye era omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nga Mukama bwe yali agambye.

Abalogo abʼomu Misiri nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe agʼekyama. Omutima gwa Falaawo ne gweyongera okukakanyala, ebya Musa ne Alooni nʼatabiwuliriza era nga Mukama bwe yali agambye;

Bwʼatyo Alooni nʼagolola omukono gwe ku mazzi gonna agʼomu Misiri; ebikere ne bivaayo ne bijjula ensi yonna eyʼe Misiri. Abalogo nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe agʼekyama, nabo ne baleeta ebikere mu nsi eyʼe Misiri.

Ne bakola nga Mukama bwʼabagambye; Alooni nʼagolola omukono gwe ogwali gukute omuggo, nʼakuba ku nfuufu ku ttaka, ne muvaamu ensekere ne zitambulira ku bantu ne ku nsolo; enfuufu yonna mu nsi yʼe Misiri nʼefuuka nsekere. Abalogo nabo ne bagezaako mu magezi gaabwe agʼekyama okufuusa ensekere, naye ne balemwa. Ensekere ne ziteevuunya ku bantu ne ku nsolo. Abalogo ne bagamba Falaawo nti, “Engalo ya Katonda bino yʼebikoze.” Naye omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nʼatabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye.

Abalogo ne batasobola kuyimirira mu maaso ga Musa olwʼamayute; kubanga amayute gaakwata abalogo nʼAbamisiri bonna.

“Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.” “Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana nʼekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi wʼensi. Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olwʼebibi bya bakitaabwe nʼebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna ogwʼabo abankyawa.

Temwekoleranga bakatonda balala wendi; temwekoleranga bakatonda ba ffeeza oba bakatonda ba zaabu.’ ”

“Omukazi omulogo omuttanga bussi.

“Omuntu atwalanga ssaddaaka eri katonda omulala, atali nze Mukama, azikirizibwenga.

“Weegenderezanga nʼokolanga byonna bye nkulagidde. Bakatonda abalala toboogerangako, era amannya gaabwe tegayitanga mu kamwa ko.

Abantu bwe baalaba nga Musa aluddeyo nnyo ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Alooni, ne bamugamba nti, “Jjangu, otukolere bakatonda abanaatukulembera; kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi yʼe Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.” Alooni nʼabaddamu nti, “Mwambule empeta eza zaabu, bakyala bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe ze bambadde ku matu gaabwe, muzindeetere.” Awo abantu bonna ne beenaanulako empeta zaabwe eza zaabu ezʼoku matu, ne bazireetera Alooni. Alooni nʼazisaanuusa; zaabu eyavaamu nʼagibumbamu ennyana, ngʼagirongoosa nʼekyuma. Ne balyoka boogera nti, “Bano be bakatonda bo ggwe Isirayiri abaakuggya mu nsi yʼe Misiri!”

bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse ne bagisinza, ne bagireetera ebiweebwayo, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isirayiri, abaakuggya mu nsi yʼe Misiri!’ ” Mukama nʼagamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye, era ndabye nga bakakanyavu. Kale, kaakano ndeka obusungu bwange bubabuubuukireko, mbazikirize; kyokka ggwe ndikufuula eggwanga ekkulu.”

Bwʼatyo Musa nʼaddayo eri Mukama, nʼagamba nti, “Kitalo! Abantu bano nga boonoonye nnyo; bwe beekoledde bakatonda aba zaabu!

Olimenyaamenya ebyoto byabwe, obetente empagi zaabwe, nʼotemaatema ebifaananyi byabwe ebibajje bye basinza. Tosinzanga katonda mulala yenna, kubanga Nze Mukama, ayitibwa Waabuggya, ndi Katonda wa buggya. “Temukolanga ndagaano eyʼokukolagana nʼabatuuze bʼomu nsi omwo. Kubanga bwe baliba bagoberera bakatonda baabwe, nga bawaayo ssaddaaka, gamba omu ku bo nʼabayita, mulirya ku biweebwayo byabwe ebyo. Era bwe muliwasiza batabani bammwe abamu ku bawala baabwe, abawala abo ne bagoberera bakatonda baabwe, balireetera batabani bammwe nabo okukola bwe batyo. “Temwekoleranga bakatonda mu byuma ebisaanuuse.”

Tebasaana kwongera kuwangayo biweebwayo byabwe eri bakatonda be beekoledde mu kifaananyi kyʼembuzi, be bakola nabyo ebyʼobwamalaaya. Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya lubeerera nʼokuyita mu mirembe egigenda okuddawo.

“Temulaganga mu bitali Katonda, era temwekoleranga bakatonda abaweese mu kyuma ekisaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe.

“Tolyanga nnyama yonna nga teweddeemu musaayi; so tokolanga bya ddogo wadde ebyʼokulagula.

Toweesalanga misale ku mubiri gwo olwʼokujjukira abaafa oba okwesalako enjola. Nze Mukama.

“Temwebuuzanga ku basamize oba okukyukiranga abalogo, kubanga bagenda kubaleetera okwonooneka. Nze Mukama Katonda wammwe.

“Tegeeza abaana ba Isirayiri bwʼoti nti, Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga atuula mu Isirayiri, bwʼanaawangayo omwana we ngʼekiweebwayo eri Moleki, kitaawe wʼomwana oyo ajjanga kuttibwa. Abantu abʼomu kitundu ekyo mwʼabeera banaamukubanga amayinja. Nange kennyini, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mmugaana okukolagananga ne banne, kubanga awaddeyo omu ku baana be ngʼekiweebwayo eri Moleki, nʼayonoona Awatukuvu wange era nʼavumisa erinnya lyange ettukuvu.

“ ‘Omuntu bwʼanaakolagananga nʼabasamize, nʼabalogo, nʼakuba nabo obwamalaaya, nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagana ne banne.

“ ‘Omusajja oba omukazi mu mmwe anaabeeranga omusamize oba omulogo, wa kuttibwanga. Mubakubanga amayinja; era omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.’ ”

“Temwekoleranga bifaananyi oba okwesimbira ebifaananyi ebyole, oba amayinja ge muyise amatukuvu, era temuteekanga mayinja mawoole mu nsi yammwe okugavuunamiranga. Nze Mukama Katonda wammwe.

Ndizikiriza ebyoto bya bakatonda bammwe, ne ntemaatema bakatonda abalala, ne ntuuma emirambo gyammwe ku mirambo gya bakatonda abalala; era ndibakyawa.

Mugobangamu abatuuze baamu bonna abagirimu kaakano. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe byonna ebibajje nʼebiweese byonna; era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu mwe basinziza.

“Ku lunaku olwo Mukama Katonda bwe yayogera gye muli ngʼasinziira wakati mu muliro ku lusozi Kolebu, temwalaba kikula kye kya ngeri yonna. Noolwekyo mwekuumenga nnyo, mulemenga okweyonoona nga mwekolera bakatonda abalala, aba buli ngeri, abali mu bifaananyi ebiri ngʼomusajja oba ngʼomukazi, oba ebifaanana ngʼensolo ezʼoku nsi, oba ngʼennyonyi ezibuuka mu bbanga, oba ebifaanana ngʼebiramu byonna ebitambulira wansi oba ebyekulula ku ttaka; oba ebifaanana ngʼebyennyanja ebiri mu mazzi agali wansi wʼettaka. Era weekuumenga nnyo bwʼonooyimusanga amaaso go okutunula waggulu ku ggulu, nʼolaba enjuba, nʼomwezi nʼemmunyeenye, nʼebitiibwa byabyo, nʼosendebwasendebwa nʼobiweereza, era nʼobivuunamira nʼobisinza; songa ebyo byonna bye bintu Mukama Katonda wo bye yawa amawanga gonna agali wansi wʼeggulu.

Kubanga Mukama Katonda wo muliro ogwokya ne gusaanyaawo, ye Katonda owʼobuggya.”

“Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.” “Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana nʼekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi wʼensi. Ebyo tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga Nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olwʼebibi bya bakitaabwe nʼebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna ogwʼabo abankyawa.

Temuweerezanga bakatonda balala, bakatonda bʼamawanga aganaabanga gabeetoolodde; kubanga Mukama Katonda wo, ali wakati mu mmwe, Katonda wa buggya; obusungu bwe bugenda kukubuubuukirangako, akuzikirize, akumalewo ku nsi.

Tofumbiriganwanga nabo. Towangayo muwala wo kufumbirwanga mutabani we, oba mutabani we okuwasanga muwala wo. Kubanga bagenda kukyamya mutabani wo alekerengaawo okugoberera Mukama, baweerezenga bakatonda abalala; era obusungu bwa Mukama bunaababuubuukirangako nʼakuzikiriza mangu. Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro.

Muzikiririzanga ddala ebifo byonna ebiri ku gasozi ne ku nsozi, ne wansi wʼagati aganene, bannaggwanga be mugenda okutwalako ensi yaabwe gye basinziza; nʼamayinja gaabwe mugaasaayasanga, nʼempagi zaabwe eza Asera mulizimenyaamenya ne muzookya mu muliro; nʼebibajje ebya bakatonda baabwe mubitemaatemanga nʼamannya gaabwe mu bifo ebyo ne mugasanguliramu ddala. Mukama Katonda wammwe, ye temumusinzanga mu ngeri eyo nga bali bwe bakola.

era ngʼamawanga ago gamaze okuzikirizibwa nga naawe olaba, weekuumanga nʼotabuuliriza ku bya bakatonda baabwe ngʼogamba nti, “Abʼomu mawanga ago baasinzanga batya bakatonda baabwe, nange njagala nkole bwe ntyo?” Mukama Katonda wo tomusinzanga mu ngeri efaanana ngʼeya bali, kubanga mu kusinza bakatonda baabwe bakoleramu ebikolobero bingi Mukama byʼatayagala, byʼakyawa. Bayokya ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.

Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu nʼakutegeeza ebyʼomu maaso nga yeeyambisa ebirooto, nʼalangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo byʼanaabanga alangiridde ne bituukirira, nʼalyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe bʼotomanyangako), towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi wʼebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala nʼomutima gwammwe gwonna nʼemmeeme yammwe yonna.

Omuntu yenna, ne bwʼabanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gwʼoyagala ennyo owʼokulusegere, nʼakusendasendanga mu kyama ngʼagamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe bʼotomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako, bakatonda abʼabantu ababeetoolodde, abʼoku muliraano, oba abeewala, okuva ensi gyʼetandikira ne gyʼekoma, tomuwulirizanga, so byʼanaakugambanga tobikolanga. Tomusaasiranga era tomuzibiikirizanga wadde okumusonyiwanga.

era ngʼajeemedde ekiragiro kyange nʼasinza bakatonda abalala, ngʼenjuba, oba omwezi, oba emmunyeenye ezʼoku ggulu, bye siragiranga okubisinzanga, ekikolwa ekyo ne kikutegeezebwangako; kale onookinoonyerezangako nʼobwegendereza. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, ngʼekibi ekyo kikoleddwa mu Isirayiri, onoofulumyanga omusajja oyo, oba omukazi oyo, akoze ekibi ekyo, wabweru wa wankaaki wʼekibuga nʼomukuba amayinja, nʼafa.

Tewabeerangawo omuntu nʼomu alirabika ngʼayisa mutabani we, oba muwala we mu muliro, ngʼekiweebwayo, oba ngʼakola ngʼomulaguzi, oba omulogo, oba omusawo wʼekinnansi, oba avvuunula ebyʼomu biseera ebijja, oba asuula abantu eddalu, oba emmandwa, oba omusamize, oba omulubaale, oba ayogera nʼemizimu, oba eyeebuuza ku baafa. Omuntu yenna anaakolanga ebintu ngʼebyo, anaabanga kivume era ekyomuzizo eri Mukama. Era olwokubanga abʼomu mawanga ago bakola ebyomuzizo ebyo, Mukama Katonda wo kyanaava abagoba mu nsi omwo ngʼogiyingira.

Naye nnabbi anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, oba aneetulinkirizanga nti Ayogera mu linnya lyange, songa si Nze mmulagidde okubyogera, nnabbi oyo wa kufa.”

“Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ngʼekyo kyonna Mukama kyʼakyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo nʼabaako ne wakiyimiriza mu kyama.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala. Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda, eri bakatonda be batamanyangako, bakatonda abaggya abaali baakatuuka bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.

Bankwasa obuggya ne bakatonda abalala, ne banyiiza nʼebifaananyi byabwe omutali nsa. Ndibakwasa obuggya olwʼabo abatali ggwanga, ndibakwasa obusungu olwʼeggwanga eritategeera.

Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga nʼokuwuliranga ebiragiro bya Mukama.

Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era nʼokuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olwʼemputtu yaabwe.

Abayisirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama, nga baweereza Babaali ne Asutoleesi ne bakatonda abʼe Busuuli, ne bakatonda abʼe Sidoni, ne bakatonda abʼe Mowaabu, ne bakatonda abʼabaana ba Amoni, ne bakatonda bʼAbafirisuuti, ne bava ku Mukama ne batamuweereza. Mukama Katonda nʼanyiigira Isirayiri, nʼabagabula mu mukono gwʼAbafirisuuti ne mu mukono gwʼabaana ba Amoni,

Awo abaana ba Isirayiri ne bakaabira Mukama nga bagamba nti, “Ddala ddala twasobya, ne tuva ku Mukama Katonda waffe, ne tuweereza Babaali.”

Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala, noolwekyo sigenda kubalokola nate. Mugende mukaabire bakatonda abo be mwasalawo okuweereza, babalokole mu nnaku yammwe.” Naye abaana ba Isirayiri ne bagamba Mukama Katonda nti, “Twayonoona. Tukole kyonna kyʼonoolaba nga kye kitusaanira. Kyokka tulokole kaakano. Ne baggya wakati mu bo bakatonda abalala, ne baweereza Mukama Katonda. Mukama nʼalumwa olwʼennaku ya Isirayiri.”

ne bagisitula ne bagiteeka mu ssabo lya Dagoni, okuliraana Dagoni. Awo abantu ba Asudodi bwe baagolokoka enkeera, baasanga Dagoni agudde mu maaso gʼessanduuko ya Mukama. Ne basitula Dagoni ne bamuzzaawo. Era ne bwe baagolokoka enkeera ku lunaku olwaddirira, baasanga Dagoni agudde mu maaso gʼessanduuko ya Mukama, ngʼomutwe gwe nʼemikono gye bikutuseeko nga bigudde mu mulyango, ngʼekiwuduwudu kye, kye kisigaddewo. Bakabona ba Dagoni nʼabo bonna abayingira mu ssabo lya Dagoni kyebava balema okulinnya ku mulyango gwʼessabo lye, ne leero. Omukono gwa Mukama ne gubonereza abantu bʼe Asudodi nʼemiriraano, nʼabaleetako entiisa era ne bakwatibwa ebizimba. Awo abantu bʼe Asudodi bwe baalaba ebyabatuukako ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri teteekwa kusigala wano naffe, kubanga omukono gwe gutuliko era guli ne ku lubaale waffe Dagoni.”

Kubanga obujeemu buli ngʼekibi ekyʼokusamira, era nʼobukakanyavu buli ngʼekibi ekyʼokusinza bakatonda abalala. Kubanga ojeemedde ekigambo kya Mukama, naye akugaanye okuba kabaka.”

Mu biro ebyo Samwiri yali amaze okufa, nga ne Isirayiri yenna bamukungubagidde, era nga yaggwa nʼokuziikibwa mu kibuga kyʼe Laama. Era Sawulo yali agobye abafumu nʼabalogo okuva mu nsi.

Awo Sawulo nʼagamba abaweereza be nti, “Munnoonyezeeyo omukazi omufumu, ŋŋende mmwebuuzeeko.” Ne bamugamba nti, “Waliwo ali Endoli.” Awo Sawulo nʼayambala engoye ezitali za bwakabaka ne yeebuzaabuza nʼalaga ewʼomukazi, ye nʼabasajja abalala babiri. Nʼayogera nti, “Ndagula, ombuulize omwoyo era onyimusize gwe nnaayogera erinnya.” Naye omukazi nʼamugamba nti, “Omanyi bulungi Sawulo kye yakola, bwe yazikiriza era nʼagoba abafumu nʼabalogo mu nsi. Kale lwaki oteeka obulamu bwange mu katego nʼoyagala okunzisa?”

Mu bisera bya Sulemaani ebyʼobukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala. Nʼatanula okusinza Asutoleesi katonda omukazi owʼAbasidoni, ne Mirukomu katonda owʼomuzizo owʼAbamoni. Sulemaani nʼakola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama nʼatagobererera ddala Mukama, nʼatakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola. Sulemaani nʼazimba ebifo ebigulumivu ku kasozi akali ebuvanjuba wʼe Yerusaalemi, ngʼabizimbira Kemosi katonda owʼomuzizo owʼAbamowaabu, ne Moleki katonda owʼomuzizo owʼAbamoni. Bakyala be bonna bannamawanga, abaayoterezanga obubaane eri bakatonda baabwe, nabo nʼabakolera bwʼatyo.

Kino ndikikola kubanga banvuddeko ne basinza Asutoleesi katonda omukazi owʼAbamoni, ne batatambulira mu kkubo lyange, wadde okukola ebituufu mu maaso gange newaakubadde okugondera ebiragiro byange oba amateeka gange, nga Dawudi kitaawe wa Sulemaani bwe yakola.

Awo Kabaka Yerobowaamu nʼaweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. Nʼagamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.”

Beezimbira ebifo ebigulumivu nʼempagi za Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omugazi. Era waaliwo nʼabaalyanga ebisiyaga mu nsi, ne bakolanga ebyʼemizizo byonna abamawanga Katonda be yagoba mu maaso gʼAbayisirayiri bye baakolanga.

Awo Eriya nʼayimirira mu maaso gʼabantu nʼayogera nti, “Mulituusa wa okutta aganaaga? Obanga Mukama ye Katonda mumugoberere, naye obanga Baali ye Katonda mugoberere oyo.” Naye abantu ne batamuddamu kigambo na kimu. Eriya nʼabagamba nti, “Nze nsigaddewo nzekka ku bannabbi ba Mukama, naye Baali alina bannabbi ebikumi bina mu ataano. Kale mutuwe ente ennume bbiri, bo beerobozeeko emu, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, naye tebagikumamu. Nange naalongoosa eyookubiri, ne ngiteeka ku nku naye sijja kuzikumamu muliro. Kale oluvannyuma mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, nange nnaakowoola erinnya lya Mukama; anaddamu nʼomuliro nga ye Katonda.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Kyʼoyogedde kirungi.”

Eriya nʼagamba bannabbi ba Baali nti, “Mmwe musooke okweroboza ente emu ennume nga bwe muli abangi, mugiteeketeeke. Mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, naye temukoleeza muliro.” Ne batwala ente ebaweereddwa ne bagiteekateeka. Oluvannyuma ne bakoowoola erinnya lya Baali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu. Ne baleekaanira waggulu nti, “Ayi Baali, otuwulire!” Naye ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna. Ne bazina nga beetooloola ekyoto kye baali bakoze. Mu ssaawa ezʼomu ttuntu Eriya nʼatandika okubaduulira, ngʼayogera nti, “Muleekaane nnyo! Katonda ddala! Osanga ali mu birowoozo bingi, oba aliko ebimutawaanya, oba ali ku lugendo. Ayinza okuba nga yeebase, nga yeetaaga kumuzuukusa.” Ne baleekaana nnyo nga bwe beesala nʼobwambe ne beefumita nʼamafumu ngʼempisa yaabwe bwe yali, okutuusa omusaayi lwe gwabakulukuta. Obudde bwali buyise nnyo, naye ne beeyongera okulagula kwabwe okutuusa ekiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi. Ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna, wadde assaayo omwoyo.

Awo Eriya nʼalyoka agamba abantu bonna nti, “Musembere kumpi nange.” Bonna ne bamusemberera, nʼaddaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kisuuliddwa. Nʼaddira amayinja kkumi nʼabiri, buli limu nʼaliteeka ku linnaalyo ngʼebika bya Yakobo bwe byali, Mukama gwe yayogerako nti, “Erinnya lye linaabanga Isirayiri.” Nʼazimba ekyoto mu linnya lya Mukama nʼamayinja ago, nʼasima olusalosalo okwetooloola ekyoto, ngʼalugyamu lita kkumi na ttaano ezʼamazzi. Nʼatindikira enku, nʼatemaatema ente, nʼagiteekako. Nʼalyoka abagamba nti, “Mujjuze ebibya bina amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ne ku nku.” Nʼabagamba baddemu bakole bwe batyo omulundi ogwokubiri, ne bakiddamu, ate era nʼabagamba okuddamu omulundi ogwokusatu ne baddamu ogwokusatu nga bwe yalagira. Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto, nʼokujjula ne gajjula olusalosalo.

Mu kiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi, nnabbi Eriya nʼasembera mu maaso nʼasaba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isirayiri, olwa leero kimanyibwe nti Ggwe Katonda mu Isirayiri, era nti nze muddu wo, era nkoze ebintu bino byonna olwʼekigambo kyo. Onziremu, Ayi Mukama, onziremu, abantu bano bamanye, Ayi Mukama nti Ggwe Katonda, era nti ggwe okyusa emitima gyabwe okudda gyʼoli.” Omuliro gwa Mukama ne gulyoka gugwa ne gwokya ekiweebwayo, nʼenku, nʼamayinja, nʼettaka, ne gumalirawo ddala nʼamazzi mu lusalosalo. Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!” Eriya nʼalyoka abalagira nti, “Mukwate bannabbi ba Baali, waleme okuba nʼomu abaddukako.” Ne babakwata, Eriya nʼabaserengesa ku kagga Kisoni, nʼabattira eyo.

Yakola ebyʼekivve ngʼagoberera ebifaananyi byʼabakatonda, ngʼAbamoli be yagoba mu maaso gʼabantu ba Isirayiri bwe baakolanga.

Awo Yolaamu bwe yalaba Yeeku, nʼamubuuza nti, “Ojja mirembe Yeeku?” Yeeku nʼamuddamu nti, “Kiyinzika kitya okubaawo emirembe, nga wakyaliwo obwenzi nʼobulogo bwa nnyoko Yezeberi?”

Ne bafulumya empagi ezaali mu ssabo lya Baali, ne bazookya. Ne bamenyaamenya empagi ya Baali, ne bamenyaamenya ne ssabo lya Baali, ne balifuula kabuyonjo ne leero.

Ne bookera obubaane ku buli kifo ekigulumivu ngʼamawanga gali Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe bwe gaakolanga. Ne bakola ebintu ebyʼekivve ne basunguwaza Mukama. Ne basinza ebifaananyi, ate nga Mukama yali abalagidde nti, “Temukolanga ekyo.”

Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga Mukama Katonda waabwe. Ne banyooma ebiragiro nʼendagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe, nʼokulabula kwe yali abawadde. Ne bagoberera bakatonda abataliimu, ate nabo ne bafuuka ebitagasa. Ne bakola ngʼamawanga agaali gabeetoolodde bwe gaakolanga, newaakubadde nga Mukama yali abalabudde nti, “Temukolanga ebyo bye bakola.” Ne bakola byonna Mukama bye yali abagaanye okukola. Ne bava ku mateeka ga Mukama Katonda waabwe gonna, ne baweesa ebifaananyi byʼennyana bibiri, ne mpagi eyʼAsera, ne basinza nʼeggye lyonna eryʼomu ggulu era ne basinzanga ne Baali. Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi nʼaboobuwala ngʼebiweebwayo mu muliro, ne bakola ebyʼobufumu nʼebyʼobulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga Mukama, okumusunguwaza. Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, nʼabagoba mu maaso ge, nʼalekawo ekika kya Yuda kyokka.

Newaakubadde nga kabona yagendayo, buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe, ne babateeka mu masabo Abasamaliya ge baali bazimbye ku bifo ebigulumivu mu bibuga byabwe.

Ne basinzanga Mukama, naye nga bwe baweereza ne bakatonda baabwe, ngʼempisa ezʼamawanga gye baali bavudde bwe zalinga. Ne leero bakyeyisa mu ngeri yʼemu. Tebasinza Mukama so tebagoberera biragiro nʼamateeka Mukama bye yalagira bazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri. Mukama bwe yakola endagaano nʼAbayisirayiri, yabalagira nti, “Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali.

Nʼaggyawo ebifo ebigulumivu nʼamenyaamenya amayinja amoole, nʼatema nʼempagi eza Baasera. Nʼamenyaamenya omusota ogwʼekikomo Musa gwe yakola, kubanga ne mu biro ebyo Abayisirayiri baagwoterezangako obubaane.

“Kyamazima, Ayi Mukama, nti bakabaka bʼe Bwasuli baazikiriza amawanga nʼensi zaabwe, ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gyʼemikono gyʼabantu, nga mbaawo nʼamayinja, era kyebaava bazikirizibwa.

Nʼawaayo mutabani we okuba ekyokebwa, ngʼakola ebyʼobufumu nʼebyʼobulogo, ate ngʼalagulwa nʼabaliko emizimu, nʼabalogo. Nʼakola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era nʼamusunguwaza.

nti, “Olwʼemizizo gino Manase kabaka wa Yuda gyʼakoze, ngʼayonoona okusinga Abamoli abaamusooka bye baakola, nʼayonoonyesa Yuda nʼebifaananyi bye, bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ndireeta ku Yerusaalemi ne ku Yuda obubi obusingirayo ddala, era na buli muntu alikiwulira, alisasamala.

Nʼatambulira mu ngeri za kitaawe, nʼasinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga.

Nʼagoba bakabona abaasinzanga ebifaananyi abaali balondeddwa bassekabaka ba Yuda okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu mu bibuga ebya Yuda nʼokwetooloola Yerusaalemi, nʼabo abayoterezanga obubaane eri Baali nʼenjuba nʼomwezi, nʼeri emunyeenye nʼeri eggye lyonna eryʼomu ggulu. Nʼaggya empagi ya Asera mu yeekaalu ya Mukama, nʼagitwala ebweru wa Yerusaalemi mu kiwonvu ekya Kiduloni, nʼagyokera eyo. Nʼagisekulasekula nʼasaasaanya evvu lyayo ku malaalo agʼabantu abaabulijjo. Ate era yamenyaamenya nʼennyumba ezʼabaalyanga ebisiyaga ezaali mu yeekaalu ya Mukama, era eyo abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa. Awo Yosiya nʼaleeta bakabona bonna okuva mu bibuga bya Yuda, nʼayonoona ebifo ebigulumivu okuva e Geba okutuuka e Beeruseba, bakabona gye baayoterezanga obubaane, era nʼamenyaamenya amasabo agaali okumpi ne wankaaki owʼoku Mulyango gwa Yoswa, omukulembeze owʼekibuga, agaali ku luuyi olwa kkono olwa wankaaki owʼekibuga.

Ate era nʼabafumu, nʼaboogeza emizimu, nʼebifaananyi, nʼebyʼemizizo byonna ebyali mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Yosiya, nʼabiwera. Ekyo yakikola okutuukiriza ebigambo ebyʼetteeka eryali mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu Yeekaalu ya Mukama.

Bwʼatyo Sawulo nʼafa olwʼobutaba mwesigwa eri Mukama, nʼobutakwata kigambo kya Mukama, ate nʼokulagulwa omusamize nʼamwebuuzaako,

Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi, naye Mukama ye yakola eggulu.

nga balonda bakabona abaabwe okuweerezanga ku bifo ebigulumivu, ne bakatonda baabwe abʼebifaananyi ebyʼembuzi nʼente, bye yali abumbye.

Nʼaggyawo ebyoto ebyʼabannamawanga nʼebifo ebigulumivu, era nʼamenyaamenya empagi, nʼebifaananyi bya Asera nʼabitemaatema.

Ne baleka yeekaalu ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera nʼebifaananyi, obusungu bwa Katonda kyebwava bubuubuukira ku Yuda ne Yerusaalemi.

Nʼawangayo ssaddaaka eri bakatonda bʼe Ddamasiko, abaali bamuwangudde, kubanga yalowooza nti, “Engeri bakatonda ba bakabaka bʼe Busuuli bwe babayambye, nnaawaayo ssaddaaka gye bali, nange bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe nʼokwa Isirayiri yenna. Akazi nʼakuŋŋaanya ebintu ebyʼomu yeekaalu ya Katonda, nʼabiggyamu, nʼaggalawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, ne yeezimbira ebyoto mu buli nsonda mu Yerusaalemi. Mu buli kibuga kya Yuda nʼazimbamu ebifo ebigulumivu okuwerangayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, nʼasunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.

Nʼakola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, ngʼagoberera ebikolwa ebyʼekivve ebyʼamawanga Mukama ge yagoba mu maaso gʼAbayisirayiri. Nʼaddaabiriza ebifo ebigulumivu kitaawe Keezeekiya bye yali amenyeemenye, nʼazimbira ne Baali ebyoto, nʼakola ne Baasera, nʼasinza era nʼaweereza nʼeggye lyonna eryʼoku ggulu.

Nʼawaayo abaana be ngʼekiweebwayo, nʼabookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, nʼakola ebyʼobufumu, nʼalagulira mu bire, nʼakola ebyʼobulogo, nʼagendanga nʼeri abaliko emizimu ne ddayimooni. Nʼakola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, nʼasunguwaza nnyo Mukama. Nʼaddira ekifaananyi ekyole kye yakola, nʼakiteeka mu yeekaalu ya Katonda, Katonda gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi muno, bye nalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga Erinnya lyange emirembe gyonna.

Ennaku yʼabo abagoberera bakatonda abalala yeeyongera. Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ezʼomusaayi, wadde okusinza bakatonda baabwe.

Kubanga baasunguwaza Katonda olwʼebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu, ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala. Katonda bwe yabiraba nʼasunguwala nnyo, nʼaviira ddala ku Isirayiri.

Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi; naye Mukama ye yakola eggulu.

Abasinza ebifaananyi ebikole nʼemikono bonna baswadde, abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole. Mumusinze mwe mwenna bakatonda.

Baasinza ebifaananyi ebikole nʼemikono ebyʼamawanga ago ne bibafuukira omutego. Baawaayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bakatonda abo. Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe abataliiko musango, be baawangayo eri ebifaananyi ebikole nʼemikono Abakanani bye baakola, ensi nʼeyonoonebwa nʼomusaayi gwabwe.

Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu, ebikolebwa nʼengalo zʼabantu, Birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba. Birina amatu, naye tebiwulira; birina ennyindo, naye tebiwunyiriza. Birina engalo, naye tebikwata; birina ebigere, naye tebitambula; ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi nʼakamu, abakozi ababikola, nʼabo bonna ababyesiga balibifaanana.

Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza, ebyakolebwa nʼemikono gyʼabantu mu ffeeza ne zaabu, birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba; birina amatu naye tebiwulira; so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka. Ababikola balibifaanana; na buli abyesiga alibifaanana.

Wayabulira abantu bo abʼennyumba ya Yakobo, kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba, nʼobulaguzi obuli nga obwʼomu Bafirisuuti, era basizza kimu ne bannamawanga.

Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe, basinza omulimu gwʼemikono gyabwe bo, engalo zaabwe gwe zeekolera.

Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, nʼabakole mu zaabu, be beekolera nga ba kusinzanga, ne babakanyuga eri emmese nʼeri ebinyira.

Abantu bwe babagamba nti Mwebuuze ku abo abaliko emizimu, nʼabasamize abakaaba ngʼennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu? Tudde eri amateeka nʼobujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.

Ngʼogudde okuva mu ggulu, ggwe emunyeenye eyʼenkya, omwana wʼemambya! Ngʼotemeddwa nʼogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga! Wayogera mu mutima gwo nti, “Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emunyeenye za Katonda; era nditeeka entebe yange waggulu ntuule ku lusozi olwʼokukuŋŋaanirako ku njuyi ezʼenkomerero ezʼobukiikakkono; ndyambuka okusinga ebire we bikoma, ndyoke nfuuke ngʼoyo ali waggulu ennyo.” Naye ossibbwa wansi emagombe, ku ntobo yʼobunnya.

Abamisiri baliggwaamu omwoyo era entegeka zaabwe zonna ndizitta; era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, nʼabasamize, nʼabaliko emizimu nʼabalogo.

Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa nʼemikono ebiriko ffeeza, nʼebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bwʼosuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”

Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.

“Nze Mukama, eryo lye linnya lyange, nʼekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.

Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti, ‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi, era baligobebwa, mu buswavu obungi.”

“Muli bajulirwa bange,” bwʼayogera Mukama, “omuweereza wange gwe nalonda: mulyoke mummanye, munzikirize, mutegeere nga Nze wuuyo: Tewali Katonda eyansooka era teriba mulala alinzirira.

Bwʼati bwʼayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we, Mukama Katonda owʼEggye: “Nze wʼolubereberye era nze nkomererayo era tewali Katonda mulala we ndi.

Abo abakola bakatonda abakole nʼemikono tebaliimu nsa, era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa. Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi, balyoke bakwatibwe ensonyi. Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba? Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi. Nʼababazzi nabo bantu buntu. Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi nʼentiisa. Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa. Omuweesi akwata ekitundu kyʼekyuma nʼakiyisa mu manda, agaliko omuliro. Akikolako nʼakitereeza nʼennyondo mu maanyi ge. Enjala emuluma, nʼaggwaamu amaanyi, tanywa mazzi era akoowa. Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo era nʼalamba nʼekkalaamu. Akinyiriza ne landa, nʼakiramba kyonna nʼekyuma ekigera, nʼakikolamu ekifaananyi kyʼomuntu ngʼomuntu bwʼafaanana, kiryoke kiteekebwe mu nnyumba. Atema emivule oba nʼaddira enzo oba omuyovu nʼagusimba oba nʼaguleka gukule nʼemiti mu kibira, oba nʼasimba enkanaga, enkuba nʼegikuza. Abantu bagukozesa ngʼenku, ezimu nʼazitwala nʼazikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya. Akuma omuliro nʼafumba emigaati. Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda nʼamusinza, akola ekifaananyi ekikole nʼemikono nʼakivuunamira.

Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda, ekifaananyi ekikole nʼemikono, era nʼakivuunamira nʼakisinza nʼakyegayirira nʼagamba nti “Mponya, kubanga ggwe katonda wange.” Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera, amaaso gaabwe gazibye nʼokuyinza ne batayinza kulaba, nʼokutegeera ne batayinza kutegeera.

Nze Mukama, tewali mulala. Tewali katonda mulala wabula nze. Ndikuwa amaanyi wadde nga tonzisaako mwoyo,

“Mwekuŋŋaanye mujje, mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga. Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje, abasaba eri katonda atasobola kubalokola.

Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe ne bapima ne ffeeza ku minzaani. Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu nʼagiweesaamu katonda waabwe, ne bagwa wansi ne basinza. Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo wʼanaayimiriranga. Nʼayimirira awo, nʼatava mu kifo kye. Oli ne bwʼamukaabirira tayinza kumuddamu, tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.

“Weeyongere nno nʼobulogo bwo nʼobufumu bwo obwayinga obungi, bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo. Oboolyawo olibaako kyoggyamu, oboolyawo olikolawo ekyobulabe. Amagezi ago gʼofuna gakukooya bukooya. Abalagulira ku munyeenye basembera, nʼabo abakebera emmunyeenye, era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako. Laba, bali ngʼebisusunku era omuliro gulibookya! Tebalyewonya maanyi ga muliro. Tewaliiwo manda ga kukubugumya wadde omuliro ogwʼokwota! Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka; bʼobonyeebonye nabo bʼoteganidde okuva mu buto bwo. Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye era tewali nʼomu ayinza okukulokola.”

“Munabba ne mutta, ne mukola obwenzi ne mulayira ebyʼobulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga; ne mulyoka mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno, eyitibwa Erinnya lyange, ne mugamba nti, ‘Tuli bulungi, tuli bulungi,’ ne mulyoka mukola ebyʼemizizo byonna? Mulowooza nti ennyumba eno eyitibwa ennyumba yange, mpuku yʼabanyazi? Laba, nze kennyini nkirabye,” bwʼayogera Mukama.

Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka wʼeggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu.

Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi nʼemmunyeenye ezʼomu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ngʼebisasiro wansi ku ttaka.

Kubanga empisa ezʼamawanga tezigasa; batema omuti mu kibira, omubazzi nʼaguyooyoota nʼebyuma bye. Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu, bagukomerera nʼenninga nʼennyondo guleme okunyeenyanyeenya.” “ Bakatonda bafaanana nga ssemufu mu nnimiro yʼebibala, era tebasobola kwogera kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula. Tobatya, tebayinza kukukola kabi konna, wadde okukola akalungi nʼakamu.”

“Bwʼoti bwʼoba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi wʼeggulu.’ ”

Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera; buli muweesi wa zaabu aswala olwʼekifaananyi kyʼakoze. Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba, era tebiriimu bulamu. Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.

Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bwʼemitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza nʼokubasinza, bajja kuba ngʼolukoba olwo olutaliiko kye lugasa.

Abantu beekolera bakatonda baabwe? Ye, naye si Katonda!”

Kubanga banvuddeko ekifo kino ne bakifuula ekya bakatonda abalala. Bookerezaamu ebiweebwayo eri bakatonda, bakitaabwe wadde bakabaka ba Yuda be batamanyangako, nga bajjuzza ekifo kino omusaayi gwʼabataliiko musango. Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Baali, bookereyo batabani baabwe mu muliro ngʼekiweebwayo eri Baali, ekintu kye siragiranga, era kye soogerangako, wadde okukirowoozaako. Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Mwegendereze, ennaku zijja, ngʼekifo kino abantu tebakyakiyita Tofesi newaakubadde Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nga bakiyita ekiwonvu ekyʼettambiro.

Amayumba gʼomu Yerusaalemi nʼaga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ngʼago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda abʼomu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’ ”

Temugoberera bakatonda balala, temubaweereza wadde okubasinza; temunsunguwaza olwʼekyo emikono gyammwe kye gyakola, nneme okubakolako obulabe.”

Noolwekyo bannabbi bammwe, nʼabalaguzi, nʼabavvuunuzi bʼebirooto, temubawuliriza wadde abalogo wadde abafumu ababagamba nti, ‘Temulibeera baddu ba kabaka wʼe Babulooni.’ Baabawa bunnabbi bwa bulimba obunaabaleetera okutwalibwa ewala okuva mu mawanga gammwe. Ndibagobera wala era mulizikirira.

Baateekawo ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakole nʼemikono, ebyʼomuzizo mu nnyumba eyitibwa Erinnya lyange ne bagyonoona. Baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, basaddaake batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro eri Moleki, newaakubadde nga sibalagiranga, wadde okukirowooza mu magezi gange, nti balikola ekintu ekibi ennyo bwe kityo kiviireko Yuda okwonoona.”

“Buli muntu talina magezi wadde okutegeera; Buli muweesi aswadde olwʼebifaananyi bya bakatonda byʼakoze nʼemikono gye. Ebifaananyi bye bya bulimba; tebirina mukka. Tebigasa, bintu bya kuzannyazannya; omusango gwabwe bwe gunajja, bajja kuzikirira.

‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo ebyʼobulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ezʼenjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bwʼabantu bange, naye ne weesigaliza obubwo?

“ ‘Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ndi mulabe wʼobulogo bwo, bwʼokozesa okuteega abantu ngʼateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ngʼebinyonyi nʼobasiba.

“Omwana wʼomuntu, abasajja bano batadde bakatonda abalala ku mitima gyabwe ne bateeka nʼebyesittaza mu maaso gaabwe. Mbakkirize banneebuuzeeko? Noolwekyo yogera gye bali obategeeze nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Omuyisirayiri yenna bwʼateeka bakatonda abalala ku mutima gwe, nʼateeka nʼebyesittaza mu maaso ge, nʼagenda eri nnabbi, nze kennyini, nze nnaamwanukulanga olwa bakatonda be abalala baayita abakulu. Bwe ntyo bwe ndikola okwewangulira emitima gyʼennyumba ya Isirayiri, bonna abaanvaako okugoberera bakatonda abalala.’

“ ‘Noolwekyo tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Mwenenye muleke bakatonda bammwe, mulekeyo ebikolwa byammwe ebyʼekivve. “ ‘Omuyisirayiri yenna oba omugenyi abeera mu Isirayiri bwʼananvangako, nʼateeka bakatonda abalala ku mutima gwe nʼateeka nʼebyesittaza mu maaso ge, ate nʼagenda eri nnabbi okunneebuuzaako, nze Mukama nze nnaamwanukulanga.

Kabaka wʼe Babulooni aliyimirira mu kifo mu masaŋŋanzira, amakubo we gaawukanira, okutegeezebwa ebigambo bya Mukama; alisuula obusaale okukuba akalulu, ne yeebuuza ku bakatonda be, era alikebera nʼekibumba.

Danyeri nʼaddamu kabaka nti, “Tewali muntu mugezigezi, newaakubadde omufumu, newaakubadde omulaguzi, newaakubadde omulogo asobola okutegeeza kabaka ekigambo kye yasabye. Waliwo Katonda owʼomu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ezʼenkomerero. Ekirooto nʼokwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino.

Abalogo, nʼabafumu, nʼAbakaludaaya, nʼabalaguzi ne bajja, ne mbategeeza ekirooto, naye ne balemwa okuntegeeza amakulu gaakyo.

Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana nʼomulangira wʼe Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu nʼajja nʼannyamba, kubanga kabaka wʼe Buperusi yali ankwatidde eyo.

Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza, beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!

Obulogo bwo ndibumalawo era toliddayo kukolima nate. Nʼebibumbe bye musinza ndibizikiriza. Ne nziggyawo nʼamayinja ge mwawonga; temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda be mwekoledde nʼemikono gyammwe. Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe, ebibuga byammwe nʼembizikiriza.

“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi. Oba ekifaananyi ekyʼekyuma, ekisomesa obulimba? Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye nga akola ebifaananyi ebitayogera! Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’ agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’ Kino kisobola okuluŋŋamya? Kibikiddwa zaabu ne ffeeza, so tekiriimu bulamu nʼakatono.

Ndigololera ku Yuda omukono gwange, era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi; era ekitundu kya Baali ekifisseewo nʼennyumba ya Bakemali, bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino, abo abavuunamira eggye eryʼomu ggulu ku nnyumba waggulu, ne balisinza nʼabo abalayira mu linnya lya Mukama, ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,

Kubanga bakatonda abalala nʼabalaguzi balaba okwolesebwa okwʼobulimba; ne baloota ebirooto ebyʼobulimba, ne bagumya abantu ebyʼobulimba. Abantu kyebava bazuŋŋana ngʼendiga, nga banyigirizibwa olwʼobutaba na musumba.

Yuda takuumye bwesigwa nʼebyʼomuzizo ne bikolebwa mu Isirayiri ne mu Yerusaalemi. Kubanga Yuda yayonoona ekifo kya Mukama ekitukuvu, kyʼayagala ennyo, bwe yawasa omuwala wa lubaale. Buli muntu yenna akola kino, oba kabona oba muntu wa bulijjo, Mukama alimuggya mu kika kya Yakobo, newaakubadde ngʼaleeta ebiweebwayo eri Mukama owʼEggye!

Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo.

Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bwʼatazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” Nikodemo nʼamuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bwʼaba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, nʼazaalibwa?” Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ngʼomuntu azaaliddwa amazzi nʼOmwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, nʼekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. Noolwekyo teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. Empewo ekuntira gyʼeyagala, nʼowulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gyʼeva newaakubadde gyegenda; bwʼatyo bwʼabeera omuntu yenna azaalibwa Omwoyo.”

“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya lyʼOmwana oyo omu yekka owa Katonda.

“Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ngʼayingira mu kisibo kyʼendiga, naye nʼalinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi.

Yesu nʼaddamu nti, “Nze kkubo, nʼamazima nʼobulamu. Tewali nʼomu ajja eri Kitange wabula ngʼayita mu Nze.

Naye Omwoyo owʼamazima, bwʼalijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo byʼawulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo.

Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi wʼeggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”

Waaliwo omusajja erinnya lye Simooni eyali omufumu omwatiikirivu mu kibuga omwo era nga yeewuunyisa nnyo abantu bonna mu Samaliya. Yeeyogerangako nti Muntu mukulu era wa kitiibwa. Era abantu bangi abʼekitiibwa nʼabatali ba kitiibwa baamwogerangako nti, “Omusajja oyo ge maanyi ga Katonda agayitibwa, ‘Amangi.’” Ne bamussangako nnyo omwoyo olwʼebyobufuusa bye yakolanga. Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ngʼabuulira ku bwakabaka bwa Katonda nʼerinnya lya Yesu Kristo abasajja nʼabakazi ne babatizibwa. Awo ne Simooni yennyini nʼakkiriza era nʼabatizibwa, nʼagobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni nʼabyewuunya nnyo.

Ne bagenda nga babuulira ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo. Eyo ne basangayo omufumu Omuyudaaya eyali nnabbi owʼobulimba, erinnya lye Balisa. Yayitanga ne Serugiyo Pawulo, gavana Omuruumi owʼoku kizinga ekyo. Gavana ono yali musajja wʼamagezi, nʼatumya Balunabba ne Sawulo ngʼayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu gʼerinnya lye mu Luyonaani), nʼabeekiikamu, nʼagezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo ebyʼokukkiriza. Naye Sawulo, era ngʼayitibwa Pawulo, nʼajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, nʼatunuulira Eruma enkaliriza, nʼamugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna nʼobukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe wʼobutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu? Kaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.” Amangwago olufu nʼekizikiza ne bimusaanikira, nʼatandika okuwammanta ngʼanoonya anaamukwata ku mukono. Awo gavana bwe yalaba ebibaddewo, nʼakkiriza, era nʼawuniikirira nnyo olwʼokuyigiriza kwʼekigambo kya Mukama.

Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu. Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru wʼekibuga, nʼagenda nʼaleeta ente ennume nʼebimuli ku wankaaki, ye nʼekibiina kyʼabantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka. Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina kyʼabantu nga baleekaana nga bagamba nti, “Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja nʼebintu byonna ebirimu.

Olunaku lumu twali tuserengeta ku mugga mu kifo we twasabiranga, ne tusisinkana omuwala omuddu ngʼaliko dayimooni eyalagulanga, era nʼafuniranga bakama be ensimbi nnyingi. Nʼatuvaako emabega ngʼaleekaana nti, “Bano baddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, era babategeeza ekkubo lyʼobulokozi.” Ekyo yakikola okumala ennaku nnyingi Pawulo nʼanyiiga. Pawulo kyeyava akyuka nʼagamba dayimooni nti, “Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo, muveeko!” Era amangwago dayimooni nʼava ku muwala.

Awo Pawulo nʼayimirira mu maaso gaabwe mu Aleyopaago, nʼabagamba nti, “Abasajja bʼomu Asene! Ntegedde nga bwe muli abannaddiini ennyo; kubanga bwe mbadde ntambulatambula ne ndaba ebyoto bya ssaddaaka bingi, ne ku kimu nga kuliko ebigambo bino nti: KYA KATONDA ATAMANYIDDWA: Mubadde mumusinza nga temumumanyi, nange kaakano njagala mbamutegeeze.” “Katonda oyo ye yakola ensi nʼebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama wʼeggulu nʼensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa nʼemikono gyʼabantu, era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini yʼawa buli muntu obulamu nʼomukka gwʼassa nʼebintu byonna. Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ngʼabaggya mu muntu omu, nʼabasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. Nʼateekateeka amawanga agalisituka nʼagaligwa, era nʼebbanga lye galimala. Era nʼagakolera nʼensalo zaago. Yakola bwʼatyo ngʼayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala. Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ngʼomu ku bawandiisi bammwe bwʼagamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’” “Obanga kino kya mazima nti Tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ngʼekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja. Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bwʼomuntu ku bintu ngʼebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya.

Abamu abaali abalogo ne baleeta ebitabo byabwe ne babyokya ngʼabantu bonna balaba. Bwe baabalirira omuwendo gwʼensimbi mu bitabo ebyayokebwa, nga guwera nga siringi emitwalo kkumi.

Beeyita abʼamagezi ne bafuuka abasirusiru, ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi kyʼomuntu aggwaawo, nʼekyʼebinyonyi, nʼekyʼebirina amagulu ana nʼekyʼebyewalula.

Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo kyʼokusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe nʼemirembe. Amiina.

Kale ku nsonga eno eyʼokulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, tumanyi bakatonda abalala bwe bataliimu nsa. Era tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, tewali mulala. Waliwo abayitibwa bakatonda abali mu ggulu ne ku nsi newaakubadde nga waliwo bakatonda bangi nʼabaami bangi.

Noolwekyo, mikwano gyange, muddukenga okusinza bakatonda abalala.

Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti Ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso? Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni musse kimu nabo. Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni. Oba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi?

Mumanyi nti Bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera. Noolwekyo njagala mutegeere nti Tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda nʼayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali nʼomu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.

Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gwʼalina nʼatali mukkiriza? Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti, “Nnaabeeranga mu bo era natambuliranga mu bo, nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.”

Abantu ngʼabo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo. Naye ekyo tekyewuunyisa, kubanga Setaani yeefuula nga malayika owʼomusana.

Naye mbeewuunya kubanga mukyuka mangu okuva ku oyo, eyabayita olwʼekisa kya Kristo, naye ne mukyuka mangu okugoberera Enjiri endala. Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola nʼokukyusa Enjiri ya Kristo. Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bwʼabuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga. Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bwʼababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga.

Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya wʼabantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu,

Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti Mu nnaku ezʼoluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, nʼenjigiriza ya baddayimooni,

Ngʼabantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu nʼoluvannyuma okulamulwa ne kutuuka,

Okukkiriza obukkiriza nti Waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza nʼokukankana ne bakankana!

Omulimba yʼani, wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo. Omuntu oyo yennyini ye Mulabe wa Kristo, era oyo takkiririza Kitaffe wadde Omwana. Kubanga buli atakkiriza Mwana era ne Kitaffe tamukkiriza. Buli ayatula Omwana aba alina ne Kitaffe.

Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi abʼobulimba bangi mu nsi. Eno yʼengeri gye tutegeeramu Mwoyo wa Katonda: buli ayatula nti Yesu Kristo yafuuka omubiri, ngʼava eri Katonda, oyo yʼalina Mwoyo wa Katonda. Naye buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo ogwʼOmulabe wa Kristo, gwe mwawulira nti ajja mu nsi, era amaze okutuuka.

Naye ffe tuli bantu ba Katonda, era buli amanyi Katonda atuwuliriza; atali wa Katonda tatuwuliriza. Eyo yʼengeri gye tusobola okwawulamu omwoyo ogwʼamazima nʼomwoyo ogwʼobulimba.

Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.

Buli asukka ku ebyo Kristo byʼayigiriza nʼatabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe nʼOmwana. Omuntu yenna bwʼajja gye muli, nʼatayigiriza bwʼatyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, nʼokulamusa temumulamusanga. Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.

Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lwʼebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni nʼebifaananyi ebyakolebwa nʼemikono ebya zaabu nʼebya ffeeza, nʼebyʼebikomo, nʼebyʼamayinja nʼomuti, ebitalaba yadde okuwulira so nʼokutambula tebitambula. Era tebeenenya butemu bwabwe, wadde obulogo, wadde obwenzi, wadde obubbi bye baakolanga.

Ogusota ogwo ogwʼamaanyi, era gwe gusota ogwʼedda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi nʼeggye lyagwo lyonna.

Ne basinza ogusota olwʼokuwa ekisolo ekikambwe obuyinza obwenkaniddaawo, era nʼekisolo ne bakisinza, nga bagamba nti, “Ani akisinga amaanyi era ani ayinza okulwana nakyo?”

Ekisolo ekyo ne kiweebwa okufuuwa omukka ogwʼobulamu mu kifaananyi kyʼekisolo ekyo kyogere, era ekifaananyi ekyo ne kittisa abantu bangi abaagaana okukisinza. Awo ekisolo ne kiragira bonna, abakulu nʼabato, abagagga nʼabaavu, abʼeddembe nʼabaddu, bateekebweko akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi, nga tewali nʼomu akkirizibwa okugula oba okutunda ekintu kyonna, nga talina kabonero akʼerinnya lyʼekisolo ekyo oba ennamba yaakyo. Ekyo kyetaaga amagezi: abo abasobola okutegeera amakulu gʼomuwendo guno babale ennamba eri ku kisolo kubanga gwe muwendo gwʼomuntu. Omuwendo ogwo guli lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.

Ne malayika omulala owookusatu nʼabagoberera ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo nʼekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo, oyo alinywa ku mwenge gwʼobusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe ekyʼobusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa nʼomuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga. Omukka gwʼokubonaabona kwabwe gunyooka emirembe nʼemirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana nʼekiro abo abaasinza ekisolo nʼekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza nʼokuteekebwako akabonero akʼerinnya lyakyo.

Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu nʼolwa kakobe era ngʼalina nʼebintu ebirala ebyʼomuwendo, nga zaabu nʼamayinja agʼomuwendo, era ngʼakutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde ebyʼomuzizo byonna ebyʼobwenzi bwe. Ebiwandiiko ebyʼekyama byali biwandiikiddwa ku kyenyi kye nga bigamba nti, “BABULOONI EKIBUGA EKIKULU. NNYINA WA BAMALAAYA BONNA, ERA NNYINA WʼEBYʼEMIZIZO MU NSI.” Ne ndaba omukazi ngʼatamidde omusaayi gwʼabatukuvu, awamu nʼogwʼabajulirwa abattibwa olwa Yesu. Bwe namulaba ne neewuunya.

Ekitangaala kyʼettaala ngʼeyaka tekirirabikira mu ggwe nate, kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna, era walimbalimba amawanga gonna nʼebyʼobulogo bwo.

Naye abo ababi nʼabatakkiriza nʼabagwagwa, nʼabassi, nʼabenzi, nʼabalogo nʼabasinza ebifaananyi, nʼabalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja eyʼomuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net