29 – Edayimooni
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Edayimooni.
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Edayimooni.
Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olwʼokusalirwako omusango.
”Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti Mu nnaku ezʼoluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, nʼenjigiriza ya baddayimooni,
”Ngʼogudde okuva mu ggulu, ggwe emunyeenye eyʼenkya, omwana wʼemambya! Ngʼotemeddwa nʼogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga! Wayogera mu mutima gwo nti, “Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emunyeenye za Katonda; era nditeeka entebe yange waggulu ntuule ku lusozi olwʼokukuŋŋaanirako ku njuyi ezʼenkomerero ezʼobukiikakkono; ndyambuka okusinga ebire we bikoma, ndyoke nfuuke ngʼoyo ali waggulu ennyo.” Naye ossibbwa wansi emagombe, ku ntobo yʼobunnya.
”Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ezʼomu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti ‘Temulyanga ku muti gwonna ogwʼomu nnimiro!’” Omukazi nʼaddamu omusota nti, “Tulya ku buli muti ogwʼomu nnimiro, kyokka Katonda yatulagira nti, ‘Temulyanga ku kibala kyʼomuti oguli wakati mu nnimiro, wadde okugukwatako, muleme okufa.’ ” Naye omusota ne gugamba omukazi nti, “Temugenda kufa. Kubanga Katonda amanyi nga lwe muligulyako amaaso gammwe lwe galizibuka, era mulifaanana nga ye, okumanyanga ekirungi nʼekibi.” Awo omukazi bwe yalaba ngʼomuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, nʼanoga ekibala kyagwo nʼalya; nʼawaako ne bba naye nʼalya.
”Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino kyʼokoze?” Omukazi nʼaddamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.” Mukama Katonda nʼagamba omusota nti, Kubanga okoze kino okolimiddwa okukira ensolo zonna ezʼawaka nʼezʼomu nsiko, oneekululiranga ku lubuto lwo era onoolyanga nfuufu ennaku zonna ezʼobulamu bwo. Nteeka obulabe wakati wo nʼomukazi, ne wakati wʼezzadde lyo nʼezzadde lyʼomukazi; ezzadde lye linaakubetentanga omutwe, naawe onoolibojjanga ekisinziiro.
”Abantu bwe beeyongera obungi ku nsi ne bazaalirwa abaana aboobuwala. Abaana ba Katonda ne balaba ngʼabawala abo balungi ne bawasa buli gwe beerondera. Awo Katonda nʼagamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; nʼennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.” Mu nnaku ezo, abaana ba Katonda bwe beegatta nʼabawala bʼabantu abo, ne babazaalamu abaana; be Banefuli abaali abatutumufu ennyo era abalwanyi abeekitalo mu biseera ebyo era ne mu biro ebyaddirira.
”Tebasaana kwongera kuwangayo biweebwayo byabwe eri bakatonda be beekoledde mu kifaananyi kyʼembuzi, be bakola nabyo ebyʼobwamalaaya. Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya lubeerera nʼokuyita mu mirembe egigenda okuddawo.
”“Temwebuuzanga ku basamize oba okukyukiranga abalogo, kubanga bagenda kubaleetera okwonooneka. Nze Mukama Katonda wammwe.
”“ ‘Omuntu bwʼanaakolagananga nʼabasamize, nʼabalogo, nʼakuba nabo obwamalaaya, nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagana ne banne.
”“ ‘Omusajja oba omukazi mu mmwe anaabeeranga omusamize oba omulogo, wa kuttibwanga. Mubakubanga amayinja; era omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.’ ”
”abaabayitanga ku kuwaayo ebiweebwayo eri bakatonda baabwe. Abaana ba Isirayiri ne balya era ne bavuunamira bakatonda abo. Bwʼatyo Isirayiri nʼayingirira ebyʼokusinzanga Baali owʼe Peoli. Obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako.
”Tewabeerangawo omuntu nʼomu alirabika ngʼayisa mutabani we, oba muwala we mu muliro, ngʼekiweebwayo, oba ngʼakola ngʼomulaguzi, oba omulogo, oba omusawo wʼekinnansi, oba avvuunula ebyʼomu biseera ebijja, oba asuula abantu eddalu, oba emmandwa, oba omusamize, oba omulubaale, oba ayogera nʼemizimu, oba eyeebuuza ku baafa.
”Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda, eri bakatonda be batamanyangako, bakatonda abaggya abaali baakatuuka bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.
”Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama era ne basinza Babayaali.
”Awo Abafirisuuti bwe bawamba essanduuko ya Katonda, ne bagiggya Ebenezeri ne bagitwala mu Asudodi; ne bagisitula ne bagiteeka mu ssabo lya Dagoni, okuliraana Dagoni. Awo abantu ba Asudodi bwe baagolokoka enkeera, baasanga Dagoni agudde mu maaso gʼessanduuko ya Mukama. Ne basitula Dagoni ne bamuzzaawo. Era ne bwe baagolokoka enkeera ku lunaku olwaddirira, baasanga Dagoni agudde mu maaso gʼessanduuko ya Mukama, ngʼomutwe gwe nʼemikono gye bikutuseeko nga bigudde mu mulyango, ngʼekiwuduwudu kye, kye kisigaddewo. Bakabona ba Dagoni nʼabo bonna abayingira mu ssabo lya Dagoni kyebava balema okulinnya ku mulyango gwʼessabo lye, ne leero. Omukono gwa Mukama ne gubonereza abantu bʼe Asudodi nʼemiriraano, nʼabaleetako entiisa era ne bakwatibwa ebizimba. Awo abantu bʼe Asudodi bwe baalaba ebyabatuukako ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri teteekwa kusigala wano naffe, kubanga omukono gwe gutuliko era guli ne ku lubaale waffe Dagoni.”
”Awo Omwoyo wa Mukama Katonda yali avudde ku Sawulo, omwoyo omubi ogwava eri Mukama ne gumucoccanga. Awo abaweereza ba Sawulo ne bamuleetera ekiteeso nti, “Laba, omwoyo omubi okuva eri Katonda gukucocca. Mukama waffe alagire abaweereza be kaakano okumunoonyeza omuntu asobola okukuba entongooli. Omwoyo omubi okuva eri Katonda bwe gunaabanga gukusseeko, bwʼanagikubanga nʼoddamu endasi, onoowuliranga bulungi nʼokkakkana.”
”Awo buli omwoyo omubi okuva eri Katonda lwe gwʼajjanga ku Sawulo, Dawudi nʼamukubiranga entongooli, Sawulo nʼakkakkana, era nʼawulira bulungiko, nʼomwoyo omubi ne gumuvaako.
”Olunaku olwaddirira omwoyo omubi okuva eri Katonda ne gujja ku Sawulo nʼamaanyi mangi, nʼayogera ebyʼobunnabbi mu lubiri lwe, Dawudi nga bwʼakuba entongooli nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo ze,
”Awo omwoyo omubi okuva eri Mukama ne gujja ku Sawulo bwe yali ngʼatudde mu nnyumba ye, ngʼakutte effumu mu mukono, Dawudi bwe yali ngʼakuba entongooli.
”Nʼatanula okusinza Asutoleesi katonda omukazi owʼAbasidoni, ne Mirukomu katonda owʼomuzizo owʼAbamoni. Sulemaani nʼakola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama nʼatagobererera ddala Mukama, nʼatakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola. Sulemaani nʼazimba ebifo ebigulumivu ku kasozi akali ebuvanjuba wʼe Yerusaalemi, ngʼabizimbira Kemosi katonda owʼomuzizo owʼAbamowaabu, ne Moleki katonda owʼomuzizo owʼAbamoni.
”Mikaaya nʼayogera nti, “Noolwekyo wulira ekigambo kya Mukama nti Nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe ye eyʼobwakabaka nga nʼeggye lyonna eryʼomu ggulu liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne mukono gwe ogwa kkono. Mukama nʼayogera nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu ayambuke okulumba Lamosugireyaadi afiire eyo?’ Omu ku bo nʼaddamu bulala, nʼomulala nʼaddamu bulala. Ku nkomerero ne wavaayo omwoyo ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nnaamusendasenda.’ “Mukama nʼabuuza nti, ‘Mu ngeri ki?’ Omwoyo ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda nfuuke omwoyo ogwʼobulimba mu mimwa gya bannabbi be bonna.’ Mukama nʼaddamu nti, ‘Ojja kusobola okumusendasenda, genda okole bwʼotyo.’ “Kale nno, Mukama atadde omwoyo omulimba mu mimwa gya buli nnabbi wo era Mukama amaliridde okukusaanyaawo.”
”Ne bava ku mateeka ga Mukama Katonda waabwe gonna, ne baweesa ebifaananyi byʼennyana bibiri, ne mpagi eyʼAsera, ne basinza nʼeggye lyonna eryʼomu ggulu era ne basinzanga ne Baali. Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi nʼaboobuwala ngʼebiweebwayo mu muliro, ne bakola ebyʼobufumu nʼebyʼobulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga Mukama, okumusunguwaza.
”Ate era nʼabafumu, nʼaboogeza emizimu, nʼebifaananyi, nʼebyʼemizizo byonna ebyali mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Yosiya, nʼabiwera. Ekyo yakikola okutuukiriza ebigambo ebyʼetteeka eryali mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu Yeekaalu ya Mukama.
”Bwʼatyo Sawulo nʼafa olwʼobutaba mwesigwa eri Mukama, nʼobutakwata kigambo kya Mukama, ate nʼokulagulwa omusamize nʼamwebuuzaako,
”Awo Setaani nʼatandika okulwana ne Isirayiri, Dawudi nʼasendebwasendebwa okubala Abayisirayiri.
”nga balonda bakabona abaabwe okuweerezanga ku bifo ebigulumivu, ne bakatonda baabwe abʼebifaananyi ebyʼembuzi nʼente, bye yali abumbye.
”Nʼawaayo abaana be ngʼekiweebwayo, nʼabookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, nʼakola ebyʼobufumu, nʼalagulira mu bire, nʼakola ebyʼobulogo, nʼagendanga nʼeri abaliko emizimu ne ddayimooni. Nʼakola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, nʼasunguwaza nnyo Mukama.
”Olunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye nʼajjiramu. Mukama nʼabuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani nʼaddamu Mukama nti, “Nva kutalaaga nsi yonna okulaba ebintu nga bwe biri.” Mukama Katonda nʼabuuza Setaani nti, “Weetegerezza omuddu wange Yobu, atalina amufaanana, anzisaamu ekitiibwa, ataliiko kyakunenyezebwa era eyeewala buli ngeri yonna eyinza okukozesa omuntu ebibi?” Setaani nʼaddamu Mukama Katonda nti, “Ekitiibwa akussaamu kya bwereere? Tomukozeeko lukomera ye nʼennyumba ye, nʼebyʼobugagga byʼalina? Buli kyʼakola okiwadde omukisa; nʼebyʼobugagga bye byeyongedde nnyo obungi! Kale geza okwate ku byʼalina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga nʼensi yonna eraba!” Mukama Katonda nʼagamba Setaani nti, “Byonna byʼalina biri mu mikono gyo, naye togeza nʼokwata ku bulamu bwe.” Oluvannyuma lwʼebyo Setaani nʼava mu maaso ga Mukama.
”Ku lunaku olulala bamalayika ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama Katonda, ne Setaani naye nʼajjiramu. Mukama Katonda nʼabuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani nʼamuddamu nti, “Nva kutalaaga ensi yonna.” Mukama Katonda nʼagamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Talina kyakunenyezebwa, mwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi bwʼatyo talina amufaanana. Anywezezza obutuukirivu bwe newaakubadde nga wansokasoka mmuzikirize awatali nsonga.” Setaani nʼamuddamu nti, “Eddiba olwʼeddiba, omuntu kyaliva awaayo byonna byʼalina olwʼokuwonya obulamu bwe; naye golola omukono gwo okwate ku magumba ge nʼomubiri gwe olabe oba taakwegaane.” Mukama Katonda nʼamugamba nti, “Weewaawo, ali mu mukono gwo, kyokka mulekere obulamu bwe.” Awo Setaani nʼava awali Mukama Katonda, nʼalwaza Yobu amayute amazibu okuva ku mutwe, okutuukira ddala ku bigere.
”Baawaayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bakatonda abo. Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe abataliiko musango, be baawangayo eri ebifaananyi ebikole nʼemikono Abakanani bye baakola, ensi nʼeyonoonebwa nʼomusaayi gwabwe.
”Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ngʼojja, gagolokosa emyoyo gyʼabafu ku lulwo, bonna abaali abakulembeze bʼensi; gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe, bonna abaali bakabaka baamawanga. Abo bonna balyogera ne bakugamba nti, “Naawe oweddemu amaanyi nga ffe! Naawe ofuuse nga ffe!” Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe, awamu nʼamaloboozi gʼennanga zo; bakwalidde envunyu, nʼensiriŋŋanyi zikubisseeko.
”Ngʼogudde okuva mu ggulu, ggwe emunyeenye eyʼenkya, omwana wʼemambya! Ngʼotemeddwa nʼogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga! Wayogera mu mutima gwo nti, “Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emunyeenye za Katonda; era nditeeka entebe yange waggulu ntuule ku lusozi olwʼokukuŋŋaanirako ku njuyi ezʼenkomerero ezʼobukiikakkono; ndyambuka okusinga ebire we bikoma, ndyoke nfuuke ngʼoyo ali waggulu ennyo.” Naye ossibbwa wansi emagombe, ku ntobo yʼobunnya.
”Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga bakwewuunye nga bagamba nti, “Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi, ngʼanyeenyanyeenya obwakabaka! Eyafuula ensi okuba eddungu nʼasuula ebibuga byayo, atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”
”Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna, kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese, ne ku kikolo kyʼomusota kulivaako enswera, nʼezzadde lyalyo liriba musota ogwʼobusagwa oguwalabuka.
”Mu biro ebyo, Mukama Katonda alibonereza nʼekitala kye, ekitala kye ekyʼamaanyi, ekikambwe era ekinene, alibonereza Lukwata omusota ogwekulungula, Lukwata omusota ogwezinga, atte nʼogusota gwʼennyanja.
”Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno: Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku ne batawaanyizibwa mu nsi erimu empologoma ensajja nʼenkazi, erimu essalambwa nʼomusota ogwʼobusagwa nga batadde ebyʼobugagga byabwe ku ndogoyi, nʼebintu byabwe ebyʼomuwendo ku mabango gʼeŋŋamira nga boolekedde ensi etaliimu magoba.
”“Buulira mu mawanga era olangirire, yimusa bendera olangirire, tolekaayo kintu kyonna ogambe nti, ‘Babulooni eriwambibwa; Beri kiswale, ne Meroddaaki kijjule entiisa. Ebifaananyi bya bakatonda abakole nʼemikono bijja kuswala era bitye.’
”“Omwana wʼomuntu kungubagira kabaka wʼe Ttuulo, omutegeeze nti, Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, ‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ngʼojjudde amagezi era nga watuukirira mu bulungi. Wali mu Adeni, ennimiro ya Katonda; buli jjinja eryʼomuwendo nga likubikako, sadio, topazi, alimasi, berulo, sokamu, yasepi, safiro, ejjinja erya nnawandagala. Okuteekebwateekebwa kwo nʼebikunyweza byakolebwa mu zaabu. Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa. Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta, nakwawula lwa nsonga eyo. Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda, nʼotambulira wakati mu mayinja agʼomuliro. Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna okuva ku lunaku lwe watondebwa, okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.
”Mu bikolwa byo ebingi, wajjula empisa embi, era nʼokola ebibi. Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda, mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga okuva mu mayinja agʼomuliro. Omutima gwo gwalina amalala olwʼobulungi bwo, ne weelimbalimba olwʼekitiibwa kyo. Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula ekyʼokusekererwa mu maaso ga bakabaka. Olwʼebibi byo ebingi nʼolwʼobukumpanya bwo oyonoonye ebifo byo ebitukuvu. Kyenava nziggya omuliro mu ggwe ne gukusaanyaawo, ne nkufuula evvu ku nsi wakati mu abo bonna abaakulabanga. Amawanga gonna agaakumanya gaatya nnyo; otuuse ku nkomerero embi, so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”
”Nʼalyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olwʼebigambo byo. Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana nʼomulangira wʼe Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu nʼajja nʼannyamba, kubanga kabaka wʼe Buperusi yali ankwatidde eyo.
”Nʼalyoka ayogera nti, “Ekindeese gyʼoli okimanyi? Mu bbanga eritali lyʼewala, nzija kuddayo okulwanyisa omulangira owʼe Buperusi, era bwe ndimuwangula, omulangira owʼe Buyonaani alijja. Naye okusooka byonna, ka nkutegeeze ebyawandiikibwa ebiri mu kitabo ekya mazima: Tewali nʼomu ambeera okuggyako Mikayiri, omulangira wammwe abakuuma.
”Awo nʼanjolesa Yoswa, kabona asinga obukulu, ngʼayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ngʼayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo okumulumiriza. Mukama nʼagamba Setaani nti, “Mukama akunenye ggwe Setaani, weewaawo Mukama eyeerondedde Yerusaalemi akunenye! Omusajja ono si kisiki ekyaka ekigibbwa mu muliro?”
”“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi nʼomwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.
”Awo Yesu nʼatwalibwa Mwoyo Mutukuvu mu ddungu okukemebwa Setaani. Nʼamala ennaku amakumi ana ngʼasiiba, nga talya, emisana nʼekiro, oluvannyuma enjala nʼemuluma. Setaani nʼajja gyʼali nʼamugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere.” Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ” Awo Setaani nʼamutwala mu kibuga ekitukuvu nʼamussa ku kitikkiro kya Yeekaalu. Nʼamugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda weesuule wansi kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliweereza bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.’ ” Yesu nʼaddamu Setaani nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ” Ate Setaani nʼamutwala ku lusozi oluwanvu nʼamulengeza ensi zonna nʼobwakabaka bwamu nʼekitiibwa kyabwo kyonna, nʼamugamba nti, “Bino byonna nnaabikuwa bwʼonoovuunama nʼonsinza.” Yesu nʼaddamu nti, “Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gwʼoweerezanga.’ ” Setaani nʼamuviira nʼagenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.
”Amawulire agʼebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, nʼabalina ebibabonyaabonya, nʼabʼensimbu nʼabo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye nʼabʼendwadde endala ezitali zimu, bonna nʼabawonya.
”“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obwʼomu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala. Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga ebyʼobunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola nʼebyamagero bingi mu linnya lyo.’ Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”
”Obudde bwe bwawungeera, ne bamuleetera abalwadde bangi abaaliko baddayimooni. Nʼayogera bwogezi kigambo baddayimooni nʼabagoba, era nʼawonya nʼabalala bonna abaali balwadde.
”Awo bwe yatuuka emitala wʼeri mu nsi yʼAbagadaleni, abasajja babiri abaaliko baddayimooni ne bava mu malaalo ne bajja gyʼali. Baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo. Ne bawowoggana nnyo nti, “Otwagaza ki, ggwe Omwana wa Katonda! Ojjidde ki okutubonyaabonya ngʼekiseera kyaffe tekinnaba kutuuka?” Walako ne we baali waaliwo eggana lyʼembizzi nga zirya, baddayimooni ne basaba Yesu nti, “Obanga ogenda kutogoba ku bantu bano, tusindike mu ggana lyʼembizzi.” Yesu nʼagamba baddayimooni nti, “Kale, mugende.” Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo. Naye abaali balunda embizzi ne badduka ne bagenda mu kibuga ne babuulira abantu byonna ebibaddewo, nʼebyʼabasajja abaaliko baddayimooni.
”Awo Yesu ne be yali nabo, bwe baali bafuluma ne bamuleetera kiggala eyali tayogera kubanga yaliko dayimooni. Yesu nʼamugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala nʼayogera. Abantu bonna ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, “Kino tekibangawo mu Isirayiri.” Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni lwa kubanga ye mukulu wa baddayimooni!”
”Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri, ne bajja gyʼali nʼabawa obuyinza okugobanga baddayimooni, nʼokuwonyanga buli ndwadde nʼokukozimba ebya buli ngeri.
”Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.
”Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe wʼamaaso era nga tayogera. Nʼamuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera nʼasobola okwogera nʼokulaba. Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, “Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?”
”Naye Abafalisaayo bwe baakiwulira ne boogera nti, “Ono agoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni.” Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe nʼabagamba nti, “Obwakabaka bwe bwawukanamu, oba ekibuga wadde amaka, tebiyinza kuyimirira. Ne Setaani bwʼagoba Setaani munne ku muntu aba yeyawuddemu. Obwakabaka bwe bunaayimirira butya? Obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, kale batabani bammwe babagoba ku bwʼani? Noolwekyo be bali basalira omusango. Naye bwe mba ngoba baddayimooni nʼamaanyi gʼOmwoyo wa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli. “Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba yʼomuntu owʼamaanyi, nʼamunyagako ebintu bye okuggyako ngʼasooka okusiba owʼamaanyi oyo? Olwo nʼalyoka anyaga ebintu bye. “Oyo atali nange, mulabe wange. Nʼoyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. Noolwekyo mbategeereza ddala nti Omuntu alisonyiyibwa buli kibi kyonna, na buli kuvvoola. Naye alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa. Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana wʼOmuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja.
”“Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya awʼokuwumulirako, ne gutafuna wa kuwummulira. Kyeguva gugamba nti, ‘Leka nzireyo mu nnyumba mwe nava.’ Bwe guddayo gusanga nkalu, nga eyereddwa era nga ntegeke. Kyeguva gugenda ne guleeta emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingira mu nnyumba omwo ne gibeera omwo. Olwo omuntu oyo nʼabeera bubi nnyo okusinga bwe yali okusooka. Bwe kityo bwe kiriba nʼomulembe guno omwonoonefu.”
”Ensigo eyagwa ku mabbali gʼekkubo efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo kya Katonda nʼatakitegeera era omulabe Setaani nʼajja nʼakimusikulako okuva ku mutima.
”Nʼabagerera olugero olulala nti, “Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana nʼomuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye, naye ekiro nga yeebase abasajja abalabe ne bajja ne basiga omuddo wakati mu ŋŋaano ye ne bagenda. Naye eŋŋaano ennungi bwe yamera, nʼomuddo ne gumerera wamu nayo. “Naye abaddu bʼomwami wʼennyumba bwe baamusemberera ne bamugamba nti, ‘Mukama waffe, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Naye ate omuddo guvudde wa?’ “Ye nʼabaddamu nti, ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaddu kyebaava bamubuuza nti, ‘Tugende tugukoolemu?’
”Ennimiro yʼensi, nʼensigo ennungi be baana bʼobwakabaka, naye omuddo be baana ba Setaani. Omulabe eyasiga ensigo ezʼomuddo ye Setaani, amakungula yʼenkomerero yʼensi nʼabakunguzi be bamalayika. “Noolwekyo ngʼomuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero yʼensi.
”Era ndikuwa ebisumuluzo byʼobwakabaka obwʼomu ggulu; era kyonna kyʼonoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli kyʼonoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga.”
”Okuva mu kiseera ekyo Yesu nʼatandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze bʼAbayudaaya ne bakabona abakulu, nʼabannyonnyozi bʼamateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire. Peetero nʼamuzza ebbali nʼatandika okumunenya ngʼamugamba nti, “Katonda akulage ekisa Mukama waffe. Bino tebirikutuukako.” Naye Yesu nʼakyukira Peetero nʼamugamba nti, “Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu.”
”“Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi. Bwe namuleese eri abayigirizwa bo tebasobodde kumuwonya.” Yesu nʼaddamu nti, “Mmwe omulembe ogutalina kukkiriza omubi. Ndituusa ddi okubeera nammwe? Ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Kale mumundeetere wano.” Yesu nʼaboggolera dayimooni, nʼava ku mulenzi, omulenzi nʼawona mu kiseera ekyo.
”“Ddala ddala mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa.
”“Mmwe emisota! Abaana bʼembalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena?
”“Bwʼatyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be.
”Nʼamalayo ennaku amakumi ana ngʼali nʼensolo ezʼomu nsiko, ngʼakemebwa Setaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza.
”Awo ne bayingira mu Kaperunawumu. Amangwago nʼayingira mu kuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nʼabayigiriza. Ne beewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ngʼabannyonnyozi bʼamateeka bwe baakolanga. Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, nʼawowoggana, ngʼagamba nti “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.” Awo Yesu nʼaguboggolera ngʼagamba nti, “Sirika era muveeko.” Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako. Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So nʼemyoyo emibi agiragira ne gimugondera.”
”Awo obudde bwe bwali buwungeera, ngʼenjuba egwa, ne bamuleetera abalwadde bonna, nʼabaaliko dayimooni. Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku luggi. Era Yesu nʼawonya abalwadde bangi abaalina endwadde ezʼenjawulo era nʼabaaliko baddayimooni bangi nʼababagobako, ne baddayimooni teyabaganya kwogera, kubanga baali bamumanyi.
”Awo nʼabuulira mu makuŋŋaaniro agʼomu kitundu kyonna ekyʼe Ggaliraaya, era nʼagoba ne baddayimooni.
”Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye nʼagikomako gireme okumwatuukiriza.
”Nʼalonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. Nʼabawa nʼobuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi nʼababiri be yalonda be bano:
”Naye abannyonnyozi bʼamateeka abaava e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, era obuyinza bwe bwʼakozesa okugoba baddayimooni.” Awo Yesu nʼabayita nʼayogera nabo mu ngero ngʼagamba nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani? Obwakabaka bwe bwawukana tebuyinza kubaawo. Nʼennyumba eyawukanye, teyinza kubeerawo. Ne Setaani bwʼatyo bwʼalwanagana yekka na yekka tayinza kubaawo. Wabula yeezikiriza yekka. Naye tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu wʼamaanyi, okunyaga ebintu bye nga tasoose kumusiba nʼalyoka anyaga ebintu bye. Ddala ddala mbagamba nti buli kintu kyonna omuntu kyʼakola kirisonyiyibwa abaana bʼabantu, ebibi nʼokuvvoola kwonna kwe bavvoola. Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe nʼemirembe naye alisingibwa omusango olwʼekibi ekyʼemirembe nʼemirembe.” Yayogera atyo gye bali kubanga baagamba nti, “Aliko omwoyo omubi.”
”Omusizi asiga ekigambo yʼasiga. Ate ensigo ezaagwa ku mabbali gʼekkubo, be bawulira ekigambo, amangwago Setaani nʼajja nʼakibatwalako.
”Yesu bwe yali yaakava mu lyato omuntu eyaliko omwoyo omubi nʼajja gyʼali ngʼava mu malaalo. Omuntu ono yasulanga mu malaalo era yali alaluse nnyo nga tewakyali na muntu asobola kumusiba. Emirundi mingi baagezangako okumussa ku mpingu nʼokusiba amagulu ge nʼenjegere naye byonna ngʼabikutulakutula. Ne wataba na muntu wʼamaanyi ayinza kumusiba kumunyweza. Naye bulijjo yatambulanga emisana nʼekiro mu malaalo ne mu nsozi. Yawowoggananga nga bwʼakaaba era nga bwe yeesalaasala nʼamayinja. Awo bwe yalengera Yesu ngʼakyali walako ku nnyanja nʼadduka nʼagenda eryato we lyagoba, nʼasinza Yesu. Nʼaleekaana nnyo nti, “Onjagaza ki, ggwe Yesu, Omwana wa Katonda, Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayirira, olwʼekisa kya Katonda, tombonyaabonya.” Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi okuva ku musajja. Awo Yesu nʼamubuuza nti, “Erinnya lyo ggwʼani?” Nʼaddamu nti, “Erinnya lyange nze Ligyoni, kubanga tuli bangi.” Nʼamwegayirira nnyo aleme okumugoba mu kitundu ekyo. Awo waaliwo eggana lyʼembizzi nnyingi nnyo ku lusozi nga zirya. Omwoyo omubi ne gwegayirira Yesu nti, “Tusindike mu mbizzi ziri.” Yesu nʼabakkiriza, ne bava ku musajja ne bayingira mu ggana lyʼembizzi. Awo eggana lyʼembizzi lyonna ne liserengetera ku kagulungujjo ne lyeyiwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo. Awo abaali bazirunda ne badduka mangu ne bagenda bategeeze abʼomu kibuga ne mu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddewo. Ekibiina kyʼabantu ne kikuŋŋaana awali Yesu, naye bwe baalaba omusajja eyaliko ligyoni ngʼayambadde bulungi era ngʼategeera bulungi, ne batya nnyo. Abo abaaliwo ne babategeeza ebyatuuka ku musajja eyaliko omwoyo omubi nʼebyatuuka ku mbizzi. Awo abantu ne batandika okwegayirira Yesu abaviire! Yesu bwe yali ngʼalinnya mu lyato, omusajja eyali abaddeko omwoyo omubi nʼamwegayirira bagende bonna. Yesu nʼatakkiriza, nʼamugamba nti, “Ddayo ewammwe mu bantu bo obabuulire ebintu byonna Mukama byʼakukoledde era nga bwʼakusaasidde.”
”Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri nʼabatuma babiri babiri era nʼabawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.
”Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.” Ne bagoba baddayimooni bangi ku bantu, ne basiiga abalwadde amafuta ne babawonya.
”Omukazi eyalina muwala we ngʼaliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, nʼajja eri Yesu, nʼagwa ku bigere bye. Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, nʼamwegayirira agobe dayimooni ku mwana we. Yesu nʼagamba omukazi nti, “Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere yʼomwana nʼekasukirwa embwa.” Naye omukazi nʼamuddamu nti, “Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era nʼembwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani zʼabaana.” Yesu nʼamugamba nti, “Olwʼekigambo ekyo, weddireyo eka, kubanga dayimooni avudde ku muwala wo.” Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.
”Awo Yesu nʼatandika okubabuulira nti, “Kigwanidde Omwana wʼOmuntu okubonaabona ennyo, nʼokugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka, nʼokuttibwa, nʼoluvannyuma lwʼennaku ssatu okuzuukira.” Yayogera nabo ku nsonga zino zonna mu lwatu, Peetero kyeyava amuzza wabbali nʼamunenya. Yesu nʼakyuka nʼatunuulira abayigirizwa be, nʼalyoka anenya Peetero nti, “Setaani dda ennyuma wange, kubanga tolowooza ku bya Katonda wabula olowooza ku byʼabantu.”
”Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo nʼagamba nti, “Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi. Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, nʼabimba ejjovu ku mimwa nʼaluma amannyo, olwo yenna nʼakakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa.” Yesu nʼagamba nti, “Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano.” Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bwʼabimba nʼejjovu ku mimwa. Yesu nʼabuuza kitaawe wʼomwana nti, “Kino kimaze bbanga ki?” Kitaawe nʼaddamu nti, “Okuviira ddala mu buto. Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina kyʼosobola okutukolera, tusaasire.” Yesu nʼamuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.” Amangwago Kitaawe wʼomwana nʼayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!” Yesu bwe yalaba ngʼekibiina kyeyongera obunene, nʼaboggolera dayimooni nti, “Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gwʼamatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga.” Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako nʼaba ngʼafudde, bangi ne balowooza nti afudde. Naye Yesu nʼamukwata ku mukono nʼamuyimiriza. Awo Yesu bwe yayingira mu nnyumba abayigirizwa be, ne bamubuuza mu kyama nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kumugoba?” Nʼaddamu nti, “Ogwʼengeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba.”
”Ku lunaku olusooka olwa wiiki, Yesu kwe yazuukirira, nʼasooka okulabikira Maliyamu Magudaleene, omukazi gwe yagobako baddayimooni omusanvu.
”Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga. Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya.
”Awo Yesu, ngʼajjudde Mwoyo Mutukuvu, nʼavaayo ku mugga Yoludaani, Omwoyo nʼamutwala mu ddungu, nʼakemebwa Setaani okumala ennaku amakumi ana. Ebbanga eryo lyonna yalimala nga talidde ku mmere, bwe lyaggwaako enjala nʼemuluma. Setaani nʼagamba Yesu nti, “Obanga oli, Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.” Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ ” Awo Setaani nʼamulinnyisa waggulu, mu kaseera katono nʼamulaga obwakabaka bwonna obwʼomu nsi. Setaani nʼamugamba nti, “Nzija kukuwa obuyinza ku obwo bwonna nʼekitiibwa kyabwo, kubanga bwonna bwa mpeebwa era nnyinza okubuwa omuntu yenna gwe njagala. Bwʼonoofukamira nʼonsinza byonna ebyo bijja kuba bibyo.” Naye Yesu nʼaddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gwʼoweerezanga yekka.’ ” Ate Setaani nʼamutwala mu Yerusaalemi, nʼamulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, nʼamugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi. Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliragira bamalayika be bakukuume. Era balikuwanirira mu mikono gyabwe, oleme okwerumya nga weekonye ekigere kyo ku jjinja.’ ” Yesu nʼaddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ” Awo Setaani bwe yamaliriza okukema Yesu mu buli ngeri yonna, nʼamuviira okutuusa ekiseera ekirala.
”Ne beewuunya nnyo okuyigiriza kwe. Kubanga yayogeranga nga nnannyini buyinza. Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko dayimooni nʼatandika okuwowoggana nti, “Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu owʼe Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.” Yesu nʼamuboggolera ngʼagamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni nʼasuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, nʼamuvaako nga tamulumizza. Buli muntu nʼatya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira nʼobuyinza nʼamaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.”
”Obudde bwe bwali buwungeera, abantu bonna abaalina abalwadde abʼendwadde eza buli ngeri, ne babaleeta eri Yesu, nʼabassaako emikono buli omu nʼamuwonya. Abamu baaliko baddayimooni, Yesu nʼabalagira ne bava ku balwadde nga bwe baleekaana nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye kubanga baamumanya nga ye Kristo, nʼatabaganya kukyogerako.
”ne bajja okumuwuliriza nʼokuwonyezebwa endwadde zaabwe. Abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi ne bawonyezebwa;
”Mu kiseera ekyo Yesu nʼawonya endwadde nnyingi eza buli ngeri: nʼabalema, nʼabaaliko emyoyo emibi, nʼazibula nʼabazibe bʼamaaso.
”Waaliwo nʼabakazi Yesu be yali agobyeko emyoyo emibi ne be yali awonyezza endwadde. Mu bo mwe mwali ne Maliyamu eyayitibwanga Magudaleene gwe yagobako baddayimooni omusanvu,
”“Kale, amakulu gʼolugero olwo ge gano: Ensigo kyʼekigambo kya Katonda. Ensigo ezaagwa ku mabbali gʼekkubo, be bawulira ekigambo, naye Setaani nʼajja nʼakibaggyako mu mutima gwabwe, si kulwa nga bakkiriza ne balokolebwa.
”Awo Yesu bwe yava mu lyato omusajja eyaliko baddayimooni nʼajja okumusisinkana ngʼava mu kibuga. Omusajja oyo yali amaze ebbanga ddene nga tayambala ngoye, nga tasula na mu nju, wabula ngʼasula mu ntaana. Awo bwe yalaba Yesu nʼawowoggana nʼagwa wansi mu maaso ga Yesu, nʼaleekaana nti, “Onjagaza ki, Yesu, Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayiridde tombonyaabonya!” Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku musajja oyo. Emirundi mingi yalumbibwanga nʼamaanyi mangi, ne bwe baamusibanga nʼenjegere, nʼakuumibwa mu masamba, yabikutulanga, ddayimooni nʼamulaza mu ddungu. Awo Yesu nʼabuuza omusajja nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” Omusajja nʼaddamu nti, “Nze Ligyoni,” kubanga omusajja yaliko baddayimooni bangi. Baddayimooni ne beegayirira Yesu aleme okubagobera mu bunnya obutakoma. Waaliwo eggana lyʼembizzi, awo ku lusozi, nga lirya, baddayimooni ne beegayirira Yesu abasindike mu mbizzi ezo. Yesu nʼabakkiriza. Baddayimooni ne bava ku musajja ne bayingira mu mbizzi, amangwago eggana lyonna ne lifubutuka nga liserengeta olusozi, ne lyewanula ku bbangabanga, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo. Abalunzi bʼembizzi ezo bwe baakiraba, ne badduka embiro ne bagenda, ne bategeeza abʼomu malundiro ne mu kibuga, ebintu byonna ebibaddewo. Ekibiina kyʼabantu ne bagenda okulaba ebibaddewo ne bajja eri Yesu, ne balaba omusajja eyagobwako baddayimooni ngʼatudde awo awali ebigere bya Yesu ngʼayambadde engoye era nga mulamu ddala! Ne batya nnyo. Abo abaaliwo okusookera ddala ne bategeeza abalala ngʼomusajja eyaliko ddayimooni bwe yawonyezebwa. Awo abantu bonna abʼensi eyo eyʼAbagerasene ne basaba Yesu abaviire, kubanga baali batidde nnyo. Nʼasaabala mu lyato nʼavaayo. Omusajja, eyagobwako baddayimooni nʼamusaba agende naye, naye Yesu nʼagaana. Nʼagamba omusajja nti, “Ddayo ewammwe obategeeze Katonda byʼakukoledde.” Omusajja nʼagenda ngʼategeeza buli gwe yasanganga mu kibuga, Yesu bye yali amukoledde.
”Awo olunaku lwali lumu Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri bonna awamu, nʼabawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu nʼokuwonya endwadde.
”Omusajja eyali mu kibiina nʼayogerera waggulu ngʼagamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina. Kubanga dayimooni buli bbanga amukwata nʼamuwowogganya, era nʼamukankanya nʼabimba ejjovu nʼamusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi. Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.” Awo Yesu nʼaddamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.” Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni nʼamusuula wansi nʼamukankanya nnyo. Yesu nʼaboggolera omwoyo omubi nʼawonya omwana, nʼamuddiza kitaawe. Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya ebyʼekitalo ebyo Yesu bye yali akola, nʼagamba abayigirizwa be nti,
”Awo abayigirizwa ensavu mu ababiri bwe baakomawo, nga basanyuka ne bategeeza Yesu nti, “Mukama waffe, ne baddayimooni baatugondera mu linnya lyo.” Yesu nʼabagamba nti, “Nalaba Setaani ngʼagwa okuva mu ggulu ngʼokumyansa kwʼeraddu! Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ezʼobusagwa nʼokuwangula amaanyi gonna agʼomulabe. Era tewali kigenda kubakola kabi. Naye temusanyuka nnyo kubanga baddayimooni babagondera, wabula mujaguze nti Amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”
”Lwali lumu Yesu nʼagoba dayimooni ku musajja eyali tayogera. Dayimooni bwe yamuvaako, omusajja oyo nʼayogera, ekibiina ne kyewuunya. Naye abantu abamu ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni, kubanga amaanyi gʼakozesa agaggya wa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni!” Abalala ne bamusaba akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa. Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, kwe kubagamba nti, “Obwakabaka bwe bulwanagana bwokka, buba bwolekedde kuzikirira, amaka bwe gayawukanamu gokka ne gokka gasasika. Noolwekyo, singa Setaani yeerwanyisa yekka obwakabaka bwe buyinza butya okuyimirirawo? Kubanga mugamba nti ngoba baddayimooni ku lwa Beeruzebuli. Era obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli kale abaana bammwe bo babagoba ku bwʼani? Be bagenda okubasalira omusango. Naye obanga ngoba baddayimooni nʼengalo ya Katonda, ekyo kikakasa nti Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.
”“Kubanga omuntu owʼamaanyi bwʼakuuma amaka ge, nga yenna yeesibye ebyokulwanyisa ebyʼamaanyi, tewaba ayinza kumutwalako bintu bye. Naye omuntu omulala amusinza amaanyi bwʼamulumba amuggyako ebyokulwanyisa bye, bye yali yeesiga, nʼatwala ebintu bye byonna, nʼabigabira abalala. “Oyo atali ku ludda lwange, mulabe wange, nʼoyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. “Omwoyo omubi bwe guva mu muntu gugenda mu kifo ekitaliimu mazzi nga gunoonya ekiwummulo. Bwe gubulwa, gugamba nti, ‘Nzija kuddayo mu nnyumba yange mwe nava.’ Bwe gukomawo gusanga ennyumba ngʼeyereddwa era ngʼetegekeddwa. Kyeguva gugenda ne gufunayo emyoyo emirala musanvu egigusinga obubi, gyonna ne giyingirira omuntu oyo. Kale embeera yʼomuntu oyo eyʼoluvannyuma nʼebeera mbi nnyo okusinga eyasooka.”
”ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola.
”Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bwʼamazeemu emyaka ekkumi nʼomunaana?”
”Awo Setaani nʼayingira mu Yuda Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi nʼababiri, nʼagenda eri bakabona abakulu nʼabakuumi ba Yeekaalu abakulu, nʼateesa nabo nga bwʼanaamuwaayo gye bali.
”“Simooni, Simooni, Setaani asabye okukuwewa ngʼeŋŋaano, naye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bwʼolimala okwenenya, yamba mu kuzimba nʼokunyweza okukkiriza kwa baganda bo.”
”Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe byʼayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bwʼayogera ebyʼobulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe wʼabalimba.
”Yesu bwe yayogera bwʼatyo, empaka mu Bayudaaya, ne zisituka buto. Bangi ku bo ne bagamba nti, “Aliko dayimooni oba si kyo alaluse. Lwaki mumuwuliriza?” Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni asobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”
”Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo ekyʼokulya mu Yesu olukwe.
”Yesu nʼaddamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo.” Awo nʼakwata ekitole, nʼakikoza nʼakiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni. Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani nʼamuyingiramu. Awo Yesu nʼamugamba nti, “Kyʼokola kikole mangu!”
”Naye Peetero nʼagamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, nʼokulimba nʼolimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gwʼennimiro? Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.”
”Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde nʼabaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.
”Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye nʼabalema bonna ne bawonyezebwa;
”Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu nʼamaanyi, eyatambula ngʼagenda akola ebirungi, ngʼawonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.”
”Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu gʼerinnya lye mu Luyonaani), nʼabeekiikamu, nʼagezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo ebyʼokukkiriza. Naye Sawulo, era ngʼayitibwa Pawulo, nʼajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, nʼatunuulira Eruma enkaliriza, nʼamugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna nʼobukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe wʼobutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu? Kaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.” Amangwago olufu nʼekizikiza ne bimusaanikira, nʼatandika okuwammanta ngʼanoonya anaamukwata ku mukono. Awo gavana bwe yalaba ebibaddewo, nʼakkiriza, era nʼawuniikirira nnyo olwʼokuyigiriza kwʼekigambo kya Mukama.
”Olunaku lumu twali tuserengeta ku mugga mu kifo we twasabiranga, ne tusisinkana omuwala omuddu ngʼaliko dayimooni eyalagulanga, era nʼafuniranga bakama be ensimbi nnyingi. Nʼatuvaako emabega ngʼaleekaana nti, “Bano baddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, era babategeeza ekkubo lyʼobulokozi.” Ekyo yakikola okumala ennaku nnyingi Pawulo nʼanyiiga. Pawulo kyeyava akyuka nʼagamba dayimooni nti, “Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo, muveeko!” Era amangwago dayimooni nʼava ku muwala. Bannannyini muwala bwe baalaba nga tewakyali ssuubi lya kwongera kumufunamu nsimbi, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babatwala mu katale eri abʼobuyinza.
”Katonda nʼakozesanga Pawulo ebyʼamagero ebyʼekitalo. Obutambaala bwe nʼebiwero ebyʼengoye ze bwe byabikkibwanga ku balwadde nga bawona, era abaabangako baddayimooni nga babavaako.
”Waaliwo Abayudaaya abaagendanga nga bagoba baddayimooni ku bantu mu buli kibuga, ne bagezaako okukozesa erinnya lya Mukama waffe Yesu, nga bagamba dayimooni ali ku mulwadde nti, “Mu linnya lya Yesu, Pawulo gwʼabuulira, nkulagira omuveeko.” Waaliwo batabani ba Sukewa, eyali kabona omukulu Omuyudaaya, musanvu, nabo abaakolanga bwe batyo. Bwe baakigezaako ku musajja eyaliko dayimooni, dayimooni nʼabagamba nti, “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe, mmwe bʼani?” Nʼababuukira nʼabasinza amaanyi bonna, nʼabataagulataagula nnyo, ne bafubutuka mu nnyumba nga bali bwereere, era nga baliko ebiwundu.
”Abamu abaali abalogo ne baleeta ebitabo byabwe ne babyokya ngʼabantu bonna balaba. Bwe baabalirira omuwendo gwʼensimbi mu bitabo ebyayokebwa, nga guwera nga siringi emitwalo kkumi.
”Era ndikuwonya mu bantu bano ne mu baamawanga gye ndikutuma okuzibula amaaso gaabwe bakyuke bave mu kizikiza badde eri omusana, nʼokuva mu buyinza bwa Setaani, badde eri Katonda balyoke basonyiyibwe ebibi bafunire wamu omugabo gwa Katonda nʼabo abatukuzibwa olwʼokunzikiriza.’
”Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya nʼokwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
”Naye Katonda yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Neesigalizzaawo abasajja kasanvu abatafukaamirira Baali.”
”Kaakano Katonda owʼemirembe ajja kubetentera Setaani wansi wʼebigere byammwe, mangu. Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga nammwe.
”Omuntu ngʼoyo mumuweeyo eri Setaani omubiri gwe guzikirizibwe, omwoyo gwe gulyoke gulokolebwe ku lunaku lwa Mukama waffe.
”Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga eryʼokusabiramu nʼoluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olwʼobuteefuga bwammwe.
”Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni musse kimu nabo. Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni. Oba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi?
”Setaani alemenga okutuwangula, kubanga tumanyi enkwe ze.
”Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. Katonda wʼemirembe gino yazibikira ebirowoozo byʼabo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri eyʼekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda.
”Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gwʼalina nʼatali mukkiriza?
”kubanga ebyokulwanyisa byaffe ebyʼolutalo, si bya mubiri wabula bya maanyi mu Katonda olwʼokuwangula ebigo, nʼolwʼokuwangula endowooza, na buli kintu ekigulumivu ekyekuluntaza okusinga amagezi ga Katonda, era nga tujeemulula buli kirowoozo, kigondere Kristo,
”kyokka neeraliikirira nnyo ngʼantya nti Si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze nʼobutukuvu obuli mu Kristo.
”Abantu ngʼabo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo. Naye ekyo tekyewuunyisa, kubanga Setaani yeefuula nga malayika owʼomusana. Noolwekyo abamuweereza bwe beefuula ngʼabaweereza bʼobutuukirivu tekitwewuunyisa. Ku nkomerero bagenda kubonerezebwa ngʼebikolwa byabwe biri.
”okusingira ddala okubikkulirwa kwe nafuna. Noolwekyo olwʼobutagulumizibwa nnyo, kyenava nfumitibwa eriggwa mu mubiri, ye mubaka wa Setaani, ankube nneme okugulumizibwa ennyo.
”Waggulu eyo, Kristo gyʼafugira obufuzi bwonna, nʼobuyinza bwonna, nʼamaanyi gonna, nʼobwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja.
”Ebyo bye mwatambulirangamu ngʼemirembe egyʼensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogwʼomukulu wʼobuyinza obwʼomu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna.
”Katonda yakigenderera atyo, ngʼayita mu kkanisa, alyoke yeeyoleke eri amaanyi nʼobuyinza ebiri mu nsi eyʼomwoyo eya waggulu, ngʼabalaga nga bwʼalina amagezi amangi agʼebika ebyʼenjawulo.
”“Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona.” Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde. Temuwanga Setaani bbanga.
”Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, nʼabʼobuyinza, nʼamaanyi agʼensi agʼekizikiza, nʼemyoyo emibi egyʼomu bifo ebya waggulu. Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olwʼakabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu.
”Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obwʼomuliro obulasibwa omubi.
”nʼaggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi nʼabʼobuyinza abʼomu bbanga, nʼabaswaza mu lwatu, nʼabawangulira ddala.
”Twayagala nnyo okudda gye muli, na ddala nze, Pawulo; nagezaako emirundi nʼemirundi, naye Setaani nʼatuziyiza.
”Omuntu yenna tabalimbalimbanga mu ngeri yonna; kubanga okuggyako ngʼobujeemu busoose okujja, nʼomuntu oli owʼobujeemu, omwana wʼokuzikirira ngʼamaze okulabisibwa, oyo alivvoola Katonda ne yeegulumiza okusinga ebintu byonna nga yeeyita katonda oba ekissibwamu ekitiibwa atuule mu yeekaalu ya Katonda omwo nga yeefuula okuba Katonda. Temujjukira ngʼebyo nabibategeeza bwe nnali nammwe? Era ekikyamuziyizza mukimanyi kubanga tagenda kujja okutuusa ngʼekiseera kye kituuse. Kubanga ekyama kyʼobujeemu kyatandika dda okukola, naye ye yennyini tagenda kujja okutuusa oyo amuziyiza lwʼaliva mu kkubo. Olwo omuntu owʼobujeemu alyoke alabisibwe, Mukama waffe Yesu gwʼalimalawo nʼomukka ogwʼomu kamwa ke nʼamuzikiriza nʼokulabisibwa kwʼokujja kwe. Omuntu oyo alijjira mu maanyi ga Setaani gonna nʼakola obubonero nʼebyʼamagero, ebyʼobulimba, era nʼobulimba obwa buli ngeri obwʼobutali butuukirivu eri abo abazikirizibwa, kubanga bagaana okukkiriza amazima okulokolebwa.
”Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza mmwe era anaabawonyanga Setaani.
”Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be nʼawaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.
”Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, si kulwa nga yeekuluntaza, nʼasalirwa omusango nga Setaani bwe yagusalirwa. Asaanira okuba ngʼassibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si ku lwa nga yeereetako ekivume.
”Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti Mu nnaku ezʼoluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, nʼenjigiriza ya baddayimooni,
”Kubanga bannamwandu abamu bakyamye ne bagoberera Setaani.
”Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, nʼokwagala era nʼokwegendereza.
”ne bava mu mutego gwa Setaani gwe baguddemu abakozese byʼayagala, ne badda engulu mu kutegeera kwabwe.
”Olwʼokubanga abaana balina omubiri nʼomusaayi, naye yalina omubiri nʼomusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi agʼokufa, ye Setaani.
”Okukkiriza obukkiriza nti Waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza nʼokukankana ne bakankana!
”Bwe muba nʼomutima omukyayi ogujjudde nʼobuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana nʼamazima. Kubanga amagezi ngʼago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani.
”Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga.
”Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ngʼempologoma enjala gyʼeruma egenda ngʼewuluguma ngʼenoonya gwʼeneerya.
”Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olwʼokusalirwako omusango.
”Baana bange, ekiseera ekisembayo kituuse. Mwategeezebwa ngʼOmulabe wa Kristo bwʼagenda okujja, era ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi, era kwe tutegeerera ngʼekiseera ekisembayo kituuse. Abantu abo tebaali baffe ddala, era kyebaava batwawukanako, kubanga singa baali baffe ddala bandisigalidde ddala mu ffe. Naye baatuvaako kiryoke kitegeerekekere ddala nga bonna si bʼewaffe. Kyokka mmwe mwafukibwako amafuta okuva eri Omutukuvu, era mumanyi byonna. Kyenva mbawandiikira, si lwa kubanga temumanyi mazima, naye lwa kubanga mugategeera era mumanyi okwawula ebyʼobulimba nʼebyʼamazima. Omulimba yʼani, wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo. Omuntu oyo yennyini ye Mulabe wa Kristo, era oyo takkiririza Kitaffe wadde Omwana.
”naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani. Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda. Ku kino abaana ba Katonda nʼaba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda.
”Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi abʼobulimba bangi mu nsi.
”Eno yʼengeri gye tutegeeramu Mwoyo wa Katonda: buli ayatula nti Yesu Kristo yafuuka omubiri, ngʼava eri Katonda, oyo yʼalina Mwoyo wa Katonda. Naye buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo ogwʼOmulabe wa Kristo, gwe mwawulira nti ajja mu nsi, era amaze okutuuka.
”Tumanyi nga tuli ba Katonda, nʼensi yonna eri mu mikono gya Setaani.
”Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bwʼatyo mulimba era mulabe wa Kristo. Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna. Buli asukka ku ebyo Kristo byʼayigiriza nʼatabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe nʼOmwana. Omuntu yenna bwʼajja gye muli, nʼatayigiriza bwʼatyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, nʼokulamusa temumulamusanga. Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.
”ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira nʼebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere nʼabassa mu kkomera eryʼekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango.
”Kale newaakubadde nga Mikayiri, ye malayika asinga obukulu, naye bwe yali akaayana ne Setaani ku mulambo gwa Musa, teyamuvuma wabula yagamba bugambi nti, “Mukama akunenye!”
”nti Mmanyi okubonaabona kwo nʼobwavu bwo, naye ngʼoli mugagga, era nʼokulimirira kwʼabo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. Temutya nʼakatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule eyʼobulamu.
”nti, Mmanyi gyʼobeera awo awali entebe yʼobwakabaka bwa Setaani, kyokka ngʼonywezezza erinnya lyange era wasigala nʼokukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gyʼabeera.
”Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani ebyʼobuziba ngʼenjogera bwʼegamba, sigenda kubassaako mugugu mulala.
”laba nnyinza okuwaayo abamu ku abo abʼomu kuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya; laba ndibaleeta okusinziza ku bigere byammwe bategeere nti Mbaagala.
”Awo malayika owookutaano nʼafuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ngʼeva mu ggulu ngʼegwa ku nsi era nʼeweebwa ekisumuluzo ekyʼobunnya obutakoma. Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ngʼoguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olwʼomukka ogwʼomu bunnya. Enzige ne ziva mu mukka ne zikka ku nsi ne ziweebwa obuyinza okuluma ngʼenjaba ezʼobusagwa. Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe. Tezaagambibwa kubatta wabula okubabonyaabonya okumala emyezi etaano nga zibaluma bulumi, ngʼobulumi bwazo buli ngʼobuva mu kubojjebwa enjaba ezʼobusagwa. Mu biro ebyo abantu balyagala okwetta naye tekirisoboka kubanga okufa kuliba kubeesamba; balyegomba okufa naye kwo, nga kubadduka buddusi! Enzige zino zaali zifaanana ngʼembalaasi ezitegekeddwa okugenda ku lutalo okulwana, ne ku mitwe gyazo nga kuli ngʼokutikkiddwa engule za zaabu ate ebyenyi byazo nga biri ngʼebyʼabantu. Obwoya bwazo nga buli ngʼenviiri zʼabakazi, ate go amannyo gaazo gaali ngʼagʼempologoma. Zaali zambadde ebyʼomu bifuba ebiri ngʼebyʼebyuma, nga nʼebiwaawaatiro byazo biwuluguma ngʼeddoboozi lya nnamuziga wʼamagaali, agʼembalaasi ennyingi nga zifubutuka okulaga mu lutalo. Zaalina emikira egibojja ngʼegyʼenjaba ezʼobusagwa. Nʼobuyinza bwazo obwʼokubonyaabonya obwaziweebwa obwʼemyezi etaano bwali mu mikira omwo. Kabaka waazo ye malayika owʼobunnya obutakoma, erinnya lye mu Lwebbulaniya ye Abadoni ate mu Luyonaani ye Apolwoni.
”Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lwʼebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni nʼebifaananyi ebyakolebwa nʼemikono ebya zaabu nʼebya ffeeza, nʼebyʼebikomo, nʼebyʼamayinja nʼomuti, ebitalaba yadde okuwulira so nʼokutambula tebitambula.
”Bwe balimala okuwa obujulirwa bwabwe, ensolo enkambwe eva mu bunnya obutakoma erirangirira olutalo ebalwanyise, era ebatte nʼokubawangula ebawangule.
”Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu nʼamayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu. Ku mukira gwʼogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼemmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso gʼomukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa.
”Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika abʼomu kibinja kye ne balwanyisa ogusota nʼeggye lya bamalayika baagwo. Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu. Ogusota ogwo ogwʼamaanyi, era gwe gusota ogwʼedda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi nʼeggye lyagwo lyonna. Ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka mu ggulu nga ligamba nti, “Kaakano obulokozi bwa Katonda, nʼamaanyi ge nʼobwakabaka bwa Katonda waffe awamu nʼobuyinza bwa Kristo we bizze. Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe, eri Katonda waffe emisana nʼekiro, agobeddwa mu ggulu. Ne bamuwangula olwʼomusaayi gwʼOmwana gwʼEndiga, nʼolwʼekigambo ekyʼobujulirwa bwabwe, ne bawaayo obulamu bwabwe nga tebatya na kufa. Noolwekyo ssanyuka ggwe eggulu, nammwe abalituulamu musanyuke. Naye mmwe ensi nʼennyanja zibasanze, kubanga Setaani asse gye muli ngʼalina obusungu bungi, ngʼamanyi nti asigazza akaseera katono.”
”Awo ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi ne guyigganya omukazi eyazaala omwana owoobulenzi. Naye omukazi nʼaweebwa ebiwaawaatiro bibiri ebinene ngʼebyʼempungu okubuuka agende mu ddungu mu kifo ekyamuteekerwateekerwa, gyʼalabiririrwa era gyʼakuumibwa, ogusota ne gutamukola kabi okumala ekiseera nʼekitundu kyʼekiseera. Ogusota ne guwandula amazzi mangi okuva mu kamwa kaagwo ne ganjaala ne gafuuka omugga nga galaga omukazi gye yali, nga gafuba okumuzikiriza. Naye ettaka ne liyamba omukazi bwe lyayasama ne limira omugga ogwo ogwayanjaala. Awo ogusota, nga gwonna gujjudde obusungu bungi, ne gugenda okulumba abaana bʼomukazi abalala, abo bonna abaali bakwata amateeka ga Katonda era nga bajulira Yesu. Ne guyimirira ku lubalama lwʼennyanja.
”Awo ne ndaba ekisolo ekikambwe nga kiva mu nnyanja, nga kirina emitwe musanvu nʼamayembe kkumi era nga kirina engule kkumi ku mayembe gaakyo, era ku buli mutwe nga kuwandiikiddwako amannya agavvoola Katonda. Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ngʼengo naye ngʼebigere byakyo biri ngʼebyʼeddubu, kyokka ngʼakamwa kaakyo kali ngʼakʼempologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo awamu nʼentebe yaakyo eyʼobufuzi era nʼobuyinza bungi. Awo ogumu ku mitwe gyagwo gwali gufumitiddwa nga gufunye ekiwundu ekyali kigenda okugutta, naye ekiwundu ekyali kigenda okugutta ne kiwona. Ensi yonna ne yeewuunya era abantu ne bagoberera ekisolo ekyo. Ne basinza ogusota olwʼokuwa ekisolo ekikambwe obuyinza obwenkaniddaawo, era nʼekisolo ne bakisinza, nga bagamba nti, “Ani akisinga amaanyi era ani ayinza okulwana nakyo?” Awo ekisolo ne kikkirizibwa okwogera ebintu ebyʼokwegulumiza nʼebyʼobuvvoozi era ne kiweebwa nʼobuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri. Ekisolo ne kitandika okuvvoola Katonda nʼobutayogera birungi ku linnya lye, ne ku kifo kye mwʼabeera, ne kivuma nʼabo ababeera mu ggulu. Ne kiweebwa obuyinza okulwanyisa abatukuvu nʼokubawangula era nʼokufuga buli kika, na buli ggwanga, na buli lulimi, na buli nsi. Era abantu bonna abaaliwo okuva ku kutondebwa kwʼensi, abatawandiikiddwa mu kitabo ekyʼObulamu ekyʼOmwana gwʼEndiga eyattibwa balisinza ekisolo ekyo. Alina amatu awulire. Buli owʼokutwalibwa mu busibe wa kusiba. Era buli owʼokuttibwa nʼekitala, wa kuttibwa na kitala. Kubanga awo okugumiikiriza nʼokukkiriza kwʼabatukuvu we kutegeererwa.
”Awo ne ndyoka ndaba ekisolo ekikambwe ekirala nga kiva mu ttaka, nga kirina amayembe abiri agali ngʼagʼakaliga akato naye ngʼeddoboozi lyakyo liri ngʼeryʼogusota. Ekisolo ekyo ne kikozesa obuyinza obwa kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu ekyawonyezebwa era ekyasinzibwa ensi yonna. Ne kikola ebyamagero ebyewuunyisa, gamba ngʼokuwandula ennimi ezʼomuliro ku nsi nga ziva mu bbanga nga buli omu alaba. Olwʼokuweebwa obuyinza okukola ebyamagero ebyo mu linnya lyʼekisolo kiri ekyasooka, abantu bangi baalimbibwalimbibwa. Ekisolo ekyo ne kiragira abantu abʼoku nsi okukola ekifaananyi ekyʼekisolo kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu ekyʼekitala ekyawona. Ekisolo ekyo ne kiweebwa okufuuwa omukka ogwʼobulamu mu kifaananyi kyʼekisolo ekyo kyogere, era ekifaananyi ekyo ne kittisa abantu bangi abaagaana okukisinza. Awo ekisolo ne kiragira bonna, abakulu nʼabato, abagagga nʼabaavu, abʼeddembe nʼabaddu, bateekebweko akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi, nga tewali nʼomu akkirizibwa okugula oba okutunda ekintu kyonna, nga talina kabonero akʼerinnya lyʼekisolo ekyo oba ennamba yaakyo. Ekyo kyetaaga amagezi: abo abasobola okutegeera amakulu gʼomuwendo guno babale ennamba eri ku kisolo kubanga gwe muwendo gwʼomuntu. Omuwendo ogwo guli lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.
”Ne malayika omulala owookusatu nʼabagoberera ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo nʼekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo, oyo alinywa ku mwenge gwʼobusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe ekyʼobusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa nʼomuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga. Omukka gwʼokubonaabona kwabwe gunyooka emirembe nʼemirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana nʼekiro abo abaasinza ekisolo nʼekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza nʼokuteekebwako akabonero akʼerinnya lyakyo.
”Awo malayika owookutaano nʼayiwa ekibya kye ku ntebe eyʼobufuzi bwʼekisolo, obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza. Nʼabo be kifuga nabo obulumi ne bubalumya obujiji,
”Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ngʼebikere nga giva mu kamwa kʼogusota, nʼakʼekisolo, nʼaka nnabbi owʼobulimba. Abo be baddayimooni abakozi bʼebyamagero abateesa nʼabafuzi bonna abʼoku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olwʼolutalo.
”Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu nʼajja nʼayogera nange, nʼaŋŋamba nti, “Jjangu nkulage ebigenda okutuuka ku mukazi malaaya omukulu atudde ku mazzi amangi. Bakabaka abʼoku nsi bayenda naye nʼabantu abʼoku nsi banywa omwenge ogwʼobwenzi bwe ne batamiira.” Bwʼatyo malayika nʼantwala mu mwoyo, mu ddungu, ne ndaba omukazi ngʼatudde ku kisolo ekimyufu ekyalina emitwe omusanvu nʼamayembe ekkumi, okwali kuwandiikiddwa amannya agavvoola Katonda. Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu nʼolwa kakobe era ngʼalina nʼebintu ebirala ebyʼomuwendo, nga zaabu nʼamayinja agʼomuwendo, era ngʼakutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde ebyʼomuzizo byonna ebyʼobwenzi bwe. Ebiwandiiko ebyʼekyama byali biwandiikiddwa ku kyenyi kye nga bigamba nti, “BABULOONI EKIBUGA EKIKULU. NNYINA WA BAMALAAYA BONNA, ERA NNYINA WʼEBYʼEMIZIZO MU NSI.” Ne ndaba omukazi ngʼatamidde omusaayi gwʼabatukuvu, awamu nʼogwʼabajulirwa abattibwa olwa Yesu. Bwe namulaba ne neewuunya. Malayika nʼambuuza nti, “Lwaki weewuunya? Nzija kukunnyonnyola ebyama ebyʼomukazi oyo era nʼekisolo kwʼatudde ekirina emitwe omusanvu nʼamayembe ekkumi.
”Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo ekyʼObulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo. “Kale kyetaaga amagezi nʼokutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu omukazi kwʼatudde, era be bakabaka omusanvu. Abataano baagwa, omu yʼaliwo kaakano, naye omulala tannajja wabula bwʼanajja kimugwanira okubeerawo ekiseera kitono. Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, kyʼekyʼomunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa. “Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu nʼekisolo okumala essaawa emu. Bonna bassa kimu era baliwa ekisolo ekikambwe, amaanyi nʼobuyinza bwabwe.
”Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gwʼEndiga, kyokka Omwana gwʼEndiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.” Awo malayika nʼaŋŋamba nti, “Amazzi ge walaba omukazi omwenzi kwʼatudde, be bantu nʼebibinja byʼabantu aba buli kika nʼaba buli lulimi. Ekisolo nʼamayembe ekkumi bye walaba birikyawa omukazi oyo ne bimulumba ne bimulwanyisa, era birimuleka bwereere nga talina kyʼayambadde ne birya omubiri gwe, ne bimwokya nʼomuliro. Kubanga Katonda ye yakibiwa bituukirize ebyo bye yasiima okukola, nʼokukola nʼomwoyo gumu nʼokuwa obwakabaka bwabwe ekisolo ekyo okutuusa ekigambo kya Katonda lwe kirituukirira. Ate omukazi gwe walabye, kyʼekibuga ekikulu ekifuga bakabaka bonna abʼoku nsi.”
”Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde! Kifuuse empuku ya baddayimooni, nʼekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu, nʼekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu, nʼekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.
”Awo ne ndyoka ndaba ekisolo nʼabafuzi abʼomu nsi nʼamaggye gaabwe nga bakuŋŋaanye balwanyise oyo eyali yeebagadde embalaasi, awamu nʼeggye lye. Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi owʼobulimba eyakolanga ebyamagero ngʼekisolo kiraba; bye yakola ngʼalimbalimba abo abakkiriza akabonero kʼekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi owʼobulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja eyʼomuliro eyaka ne salufa. Abaasigalawo ne battibwa nʼobwogi bwʼekitala ekyava mu kamwa kʼoyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ezʼomu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.
”Awo ne ndaba malayika ngʼakka okuva mu ggulu ngʼalina ekisumuluzo ekyʼobunnya obutakoma era ngʼalina olujegere oluzito mu mukono gwe. Nʼakwata ogusota guli ogwʼedda, ye Setaani, nʼagusiba mu lujegere gumale emyaka lukumi, nʼagusuula mu bunnya obutakoma era nʼagusibiramu nʼateekako nʼenvumbo guleme kulimbalimba mawanga nate okutuusa ngʼemyaka olukumi giweddeko. Bwe giriggwaako, Setaani ngʼasumululwa okumala akaseera katono.
”Awo emyaka olukumi bwe giriggwaako, Setaani aliteebwa okuva mu kkomera lye. Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga agʼomu nsonda ennya ezʼensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye eryʼokulwana eritasoboka na kubalika nga liri ngʼomusenyu ogwʼoku lubalama lwʼennyanja. Ne bambuka basale olusenyi olunene olwʼensi balyoke bazingize abatukuvu okuva ku buli luuyi lwʼekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro ne guva mu ggulu ne gubookya era ne gubamalawo.
”Awo Setaani eyabalimbalimba nʼasuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro eyaka ne salufa, omuli ekisolo ne nnabbi owʼobulimba era banaabonyaabonyezebwanga emisana nʼekiro emirembe nʼemirembe.
”