28 – Bamalayika
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Bamalayika.
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Bamalayika.
Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama, nʼabawonya.
”Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti, “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo, ne bafuuka entebe yʼebigere byo”? Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.
”Mbategeeza nti Mu ngeri yʼemu omukozi wʼebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”
”Bwe yamala okugobamu omuntu, nʼateekamu Bakerubi nʼekitala ekimyansa ekyʼobwogi ku buli ludda okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogwʼobulamu.
”Era Malayika wa Mukama nʼamugamba nti, “Ezadde lyo ndiryaza waleme kubeerawo asobola kulibala.” Ate malayika wa Mukama nʼamugamba nti, “Laba, olina omwana mu nda yo, aliba wabulenzi, olimutuuma Isimayiri, kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo. Aliba ngʼentulege, anaalwananga na buli muntu era na buli muntu anaalwananga naye, era anaabanga mu bulabe ne baganda be.”
”Awo Mukama nʼalabikira Ibulayimu mu mivule gya Mamule, mu ttuntu ngʼatudde mu mulyango gwa weema ye. Bwe yasitula amaaso ge nʼalaba, era laba, abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge. Bwe yabalaba, nʼadduka okuva mu mulyango gwa weema ye, okubasisinkana nʼagwa wansi,
”Ne baziba amaaso gʼabasajja abaali ebweru ku luggi lwʼennyumba, abato nʼabakulu, ne bakoowa nga bawammanta oluggi. Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti, “Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino; kubanga tuli kumpi okukizikiriza. Kubanga okukaaba olwʼabantu baamu eri Mukama kuyitiridde, era Mukama atutumye okukizikiriza.” Awo Lutti nʼafuluma nʼategeeza bakoddomi be abaali abʼokuwasa bawala be ngʼagamba nti, “Musituke, muve mu kifo kino, kubanga Mukama ali kumpi kukizikiriza.” Naye yafaanana ngʼabalaata eri bakoddomi be. Lutti nʼabʼennyumba ye ne badduka. Naye obudde bwe bwali bunaatera okukya, bamalayika ne balagira Lutti nga bagamba nti, “Golokoka, otwale mukazi wo ne bawala bo ababiri abali wano muleme okuzikirira ngʼekibuga kibonerezebwa.”
”Naye malayika wa Mukama nʼamukoowoola ngʼasinziira mu ggulu, nʼagamba nti, “Ibulayimu! Ibulayimu!” Ibulayimu nʼaddamu nti, “Nze nzuuno.” Nʼamugamba nti, “Togolola mukono gwo ku mulenzi so tomukola kintu na kimu, kubanga kaakano ntegedde nti otya Katonda, ndabye nti omwana wo tomunnyimye, omwana wo omu yekka bwʼati.”
”Awo malayika wa Mukama nʼayita Ibulayimu omulundi ogwokubiri ngʼasinziira mu ggulu, nʼamugamba nti, “Nze Mukama neerayiridde, nga bwʼokoze kino, nʼotonnyima mwana wo omu yekka bwʼati, ddala ndikuwa omukisa, era ndyaza ezzadde lyo, ne liba ngʼemmunyeenye ezʼeggulu era ngʼomusenyu oguli ku lubalama lwʼennyanja. Era ezzadde lyo balitwala ebyʼabalabe baabwe, era mu zzadde lyo amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa, kubanga ogondedde eddoboozi lyange.”
”Nʼaloota ngʼalaba eddaala eggwanvu nga liva ku nsi okutuuka mu ggulu, era nga bamalayika ba Katonda balikkirako era nga balinnyirako,
”Ne mu kirooto ekyo malayika wa Katonda nʼampita nti, ‘Yakobo.’ Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’
”Awo Yakobo nʼakwata ekkubo lye, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. Yakobo bwe yabalaba nʼagamba nti, “Lino ggye lya Katonda.” Ekifo ekyo nʼalyoka akituuma Makanayimu.
”Malayika wa Mukama nʼamulabikira ngʼasinziira mu muliro ogwaka, mu makkati gʼekisaka. Musa nʼatunuulira ekisaka, nʼalaba nga kyaka naye nga tekisiriira. Musa nʼayogera mu mwoyo gwe nti, “Leka nneetoolooleko neetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, ekyʼekitalo, ekireetedde ekisaka obutasiriira.”
”Awo malayika wa Katonda eyali akulembera abaana ba Isirayiri nʼakyuka nʼabadda emabega; nʼempagi eyʼekire ne yejjulula okuva mu maaso gaabwe, nʼeyimirira emabega waabwe: Bwʼetyo nʼebeera wakati wʼabaana ba Isirayiri nʼeggye lyʼAbamisiri. Ekiro, ekire ne kireeta ekizikiza ku ludda lwʼAbamisiri, naye ne kireeta omuliro okumulisa oludda lwʼAbayisirayiri; ekiro kyonna ne wataba ggye lisemberera linnaalyo.
”“Laba, ntuma malayika akukulembere, akutuuse bulungi mu kifo kye nteeseteese.
”Malayika wange alikwesooka mu maaso akukulemberenga akutuuse mu nsi yʼAbamoli, ne mu yʼAbakiiti, ne mu yʼAbaperezi, ne mu yʼAbakanani, ne mu yʼAbakiivi, ne mu yʼAbayebusi, nange ndibazikiririza ddala.
”Era okolereko ebifaananyi bya bakerubi babiri mu zaabu empeese, ku njuyi ebbiri ezʼekisaanikira. Oteeke ekifaananyi kya kerubi omu ku ludda lumu olwʼekisaanikira, nʼekifaananyi kya kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga ebifaananyi bya bakerubi byombi byekutte wamu nʼekisaanikira. Ebiwaawaatiro bya bakerubi bibe bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikiriza ekisaanikira. Bakerubi batunulagane nga boolekedde ekisaanikira. Ekisaanikira onookissa kungulu ku Ssanduuko; ekiwandiiko ekyʼEndagaano eyʼAmateeka kye nnaakuwa, okisse munda mu Ssanduuko. Awo waggulu wʼekisaanikira, mu bakerubi bombi abali ku Ssanduuko eyʼEndagaano, we nzija okukusisinkana ndyoke nkuwe ebiragiro byange byonna bye nkoledde abaana ba Isirayiri.
”Kaakano genda otwale abantu mu kifo ekyo kye nakutegeeza; era, laba, malayika wange ajja kukukulembera. Naye ekiseera nga kituuse okubabonereza ndibabonerereza ddala olwʼekibi kyabwe.”
”Ndiweereza malayika abakulemberenga; era ndigobamu Abakanani, nʼAbamoli, nʼAbakiiti, nʼAbaperezi, nʼAbakiivi nʼAbayebusi.
”Awo Musa bwe yayingira mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu okwogera ne Mukama, nʼawulira eddoboozi nga lyogera gyʼali nga liva wakati wa bakerubbi ababiri abali waggulu wʼentebe eyʼokusaasira eri ku Ssanduuko eyʼEndagaano. Ne lyogera naye.
”naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, nʼatutumira malayika nʼatuggya mu nsi yʼe Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo nʼensi yo.
”Naye Katonda nʼasunguwala nnyo kubanga Balamu yagenda, malayika wa Mukama Katonda nʼayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balamu yali yeebagadde endogoyi ye, abaweereza be babiri nabo baali naye. Endogoyi nʼeraba malayika wa Mukama Katonda ngʼayimiridde mu kkubo, nʼekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe; endogoyi nʼekyama nʼeva mu kkubo nʼeraga mu nnimiro. Balamu nʼagikuba agizze mu kkubo. Malayika wa Mukama Katonda nʼayimirira mu kakubo akafunda akayita wakati wʼennimiro zʼemizabbibu nga ziriko ekisenge ku buli luuyi. Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda ne yeenyigiriza ku kisenge, nʼebetenterako ekigere kya Balamu. Nʼayongera okugikuba. Malayika wa Mukama Katonda ne yeeyongerayo mu maaso, nʼayimirira mu kakubo akafunda ennyo, awataali kabanga ka kwekyusizaamu kulaga ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono. Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda nʼegalamira wansi, nga Balamu ye agituddeko; obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, nʼakuba endogoyi nʼomuggo gwe. Awo Mukama Katonda nʼayasamya akamwa kʼendogoyi, nʼegamba Balamu nti, “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino gyonsatule?” Balamu nʼagamba endogoyi nti, “Kubanga onfudde atategeera! Singa mbadde nʼekitala mu mukono gwange nandikuttiddewo kaakano.” Endogoyi nʼegamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna nʼokutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu nʼaddamu nti, “Nedda.”
”Awo Mukama Katonda nʼalyoka azibula amaaso ga Balamu, nʼalaba malayika wa Mukama ngʼayimiridde wakati mu kkubo nʼekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe. Nʼawunzika omutwe gwe, ne yeevuunika wansi nʼavuunama. Malayika wa Mukama Katonda nʼamugamba nti, “Lwaki endogoyi ogikubye emirundi egyo gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza kubanga ekkubo lyʼokutte terinsanyusa. Endogoyi yandabye nʼenneebalama emirundi egyo esatu. Singa teyanneebalamye, nandibadde ggwe nkusse, naye yo nga ngirese.” Balamu nʼagamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Nnyonoonye. Saategedde nti ggwe oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale nno nga kye nkoze bwe kitakusanyusizza, ka nzireyo eka.” Malayika wa Mukama Katonda nʼagamba Balamu nti, “Genda nʼabasajja abo, naye ebigambo bye nnaakulagira bye byokka byʼoba oyogera.” Bwʼatyo Balamu nʼagenda nʼabakungu ba Balaki.
”Awo Yoswa bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko bwe yayimusa amaaso nʼalaba omusajja akutte ekitala ekisowole ngʼamwolekedde. Yoswa kyeyava amusemberera nʼamubuuza nti, “Oli ku ludda lwaffe oba ku lwa balabe baffe?” Ye nʼamuddamu nti, “Siriiko ludda. Nze mukulu wʼeggye lya Mukama era ntuuse.” Yoswa nʼagwa wansi, nʼavuunama nʼamusinza era nʼamubuuza nti, “Mukama wange, oŋŋamba ki omuddu wo?” Naye omukulu wʼeggye lya Mukama nʼamuddamu nti, “Yambulamu engatto zo kubanga ekifo kino mwʼoli kitukuvu.” Ne Yoswa naye nʼakola nga bwe yalagirwa.
”Malayika wa Mukama bwe yamala okugamba Abayisirayiri bonna ebigambo bino ne balyoka batema emiranga.
”Emunyeenye zaalwana nga zisinziira mu ggulu, zaalwanyisa Sisera nga bwe zetoloola mu bbanga.
”Malayika wa Mukama Katonda nʼamulabikira, nʼamugamba nti, “Ggwe omusajja omulwanyi namige. Mukama ali wamu naawe.”
”Awo malayika wa Mukama Katonda nʼakoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa nga yeeyambisa omuggo gwe yalina. Omuliro ne guva mu jjinja ne gububuuka ne gwokya ennyama nʼemigaati egitazimbulukuswa byonna ne bisaanawo. Amangwago malayika wa Mukama nʼabulawo. Gidyoni nʼategeera ngʼoyo abadde malayika wa Mukama; Gidyoni nʼagamba nti Zinsanze, Ayi Mukama Katonda, kubanga tulabaganye ne malayika wa Mukama maaso ku maaso.
”Awo omukazi nʼagenda nʼategeeza bba, ngʼagamba nti, “Omusajja wa Katonda yandabikidde mu kifaananyi kya malayika wa Katonda, era natidde nnyo. Simubuuzizza gyʼavudde, ate era naye tambulidde linnya lye.
”Malayika wa Mukama Katonda nʼamuddamu nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Lisukka okutegeera.” Awo Manowa nʼaddira akabuzi akato, nʼekiweebwayo ekyʼempeke, nʼabiwaayo nga ssaddaaka ku lwazi eri Mukama Katonda. Ne wabaawo ekyʼekyewuunyo nga Manowa ne mukazi we balaba. Omuliro bwe gwava mu Kyoto okugenda eri eggulu, malayika wa Mukama Katonda nʼakkira mu muliro gwʼekyoto. Manowa ne mukazi we bwe baamulaba, ne bagwa wansi ne bavuunama ngʼobwenyi bwabwe butuukira ddala ku ttaka.
”Awo Mukama Katonda nʼaweereza kawumpuli ku Isirayiri okuva ku makya okwo okumala ekiseera Mukama kye yateekateeka, abantu emitwalo musanvu ne bafa okuva mu bitundu ebya Ddaani okutuuka e Beeruseba. Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olwʼekikolwa ekyo, nʼagamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa Mukama Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi. Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda eyabonereza abantu, nʼayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze ebyʼekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze nʼennyumba ya kitange.”
”Nʼagalamira wansi wʼomwoloola ne yeebaka. Amangwago malayika nʼamukomako, nʼamugamba nti, “Golokoka olye.” Nʼagolokoka, laba ngʼemitwetwe we waliwo akasumbi kʼamazzi nʼomugaati omwokye. Nʼalya nʼanywa, nʼaddamu nʼagalamira. Malayika wa Mukama nʼakomawo omulundi ogwokubiri nʼamukomako nʼamugamba nti, “Golokoka olye, kubanga olugendo lunene.” Awo nʼagolokoka nʼalya, nʼanywa, nʼafuna amaanyi, era nʼatambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana nʼekiro, okutuuka e Kolebu, olusozi lwa Katonda.
”Mikaaya nʼayogera nti, “Noolwekyo wulira ekigambo kya Mukama nti Nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe ye eyʼobwakabaka nga nʼeggye lyonna eryʼomu ggulu liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne mukono gwe ogwa kkono.
”Awo malayika wa Mukama nʼagamba Eriya nti, “Serengeta naye, so tomutya.” Awo Eriya nʼasituka nʼaserengeta nʼomubaka wa kabaka eri kabaka.
”Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali eyʼomuliro nʼembalaasi ezʼomuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya nʼatwalibwa mu ggulu mu mbuyaga eyʼamaanyi. Awo Erisa bwe yalaba ekyo, nʼayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali nʼabeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa nʼataddamu kumulaba nate. Nʼaddira engoye ze yali ayambadde, nʼaziyuzaayuza.
”Awo Erisa nʼasaba ngʼagamba nti, “Ayi Mukama, zibula amaaso ge asobole okulaba.” Amangwago Mukama nʼazibula amaaso agʼomuweereza, laba ngʼensozi zijjudde embalaasi nʼamagaali agʼomuliro nga geetoolodde Erisa.
”Keezeekiya nʼasaba eri Mukama ngʼagamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda owʼobwakabaka bwonna obwʼensi, era ggwe wakola eggulu nʼensi.
”Ekiro ekyo malayika wa Mukama nʼagenda mu nkambi eyʼAbasuuli nʼatta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo.
”Awo Mukama Katonda nʼaweereza kawumpuli ku Isirayiri, abantu emitwalo musanvu ne bafa. Ate era Katonda nʼatuma malayika okuzikiriza Yerusaalemi. Naye Mukama bwe yalaba ebyo byonna, nʼalumwa nnyo olwʼebyo byonna, nʼalagira malayika eyali azikiriza abantu nti, “Ekyo kimala! Zzaayo omukono gwo.” Mu kiseera ekyo malayika wa Mukama Katonda yali ayimiridde kumpi ne gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. Dawudi nʼayimusa amaaso ge, nʼalaba malayika wa Mukama Katonda ngʼayimiridde wakati wʼensi nʼeggulu ngʼasowodde ekitala mu mukono gwe, nga kigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi nʼabakadde, nga bambadde ebibukutu ne bavuunama amaaso gaabwe.
”Mu biro ebyo Eweema ya Mukama, Musa gye yali azimbidde mu ddungu, nʼekyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa byali mu kifo ekigulumivu e Gibyoni. Naye Dawudi yali tasobola kugendayo kwebuuza ku Katonda, kubanga yali atya ekitala kya malayika wa Mukama Katonda.
”Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo nʼabajjirayo bakerubi babiri nʼabasiiga ne zaabu. Obugazi bwe biwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda, ngʼekimu obuwanvu bwakyo kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kisenge kya yeekaalu, nʼekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi omulala.
”Bakerubi baayanjalanga ebiwaawaatiro byabwe okubuna ekifo ekyʼessanduuko, ne babikkanga essanduuko nʼemisituliro gyayo.
”Awo Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi ne basaba nga bakaabira eri eggulu ku nsonga eyo. Mukama nʼatuma malayika, nʼatemaatema abasajja abalwanyi abazira abʼamaanyi bonna nʼabaduumizi, nʼabakungu mu nkambi ya kabaka wʼe Bwasuli. Sennakeribu nʼaddayo mu nsi ye ngʼensonyi zimukutte. Bwe yayingira mu yeekaalu ya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutta nʼekitala.
”Ggwe wekka, ggwe Mukama, era ggwe wakola eggulu, nʼeggulu erya waggulu, nʼeggye lyalyo lyonna, nʼensi nʼebigirimu byonna, nʼennyanja nʼebigirimu byonna. Buli kintu gwʼokiwa obulamu, era nʼeggye eryʼomu ggulu likusinza.”
”Olunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye nʼajjiramu.
”Ku lunaku olulala bamalayika ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama Katonda, ne Setaani naye nʼajjiramu.
”Emunyeenye ezʼoku makya bwe zaali ziyimba, era nʼabaana ba Katonda bonna nga baleekaana olwʼessanyu,
”Omuntu kye ki ggwe okumujjukira, omuntu obuntu ggwe okumufaako? Kubanga wamukola nʼabulako katono okuba nga Katonda; nʼomussaako engule eyʼobukulu nʼekitiibwa.
”Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama, nʼabawonya.
”Babe ngʼebisusunku ebifuumuulibwa empewo, malayika wa Mukama ngʼabagoba. Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ngʼabagoba. Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze, ne bansimira nʼekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,
”Mukama ava ku lusozi Sinaayi nga yeetooloddwa amagaali enkumi nʼenkumi nʼajja mu kifo kye ekitukuvu.
”Nʼabaweereza maanu okuva mu ggulu balye. Yabawa emmere eyava mu ggulu. Abantu ne balya emmere ya bamalayika; Mukama nʼabawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.
”Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako, nʼekiruyi kye nʼobukambwe ne bibamalamu ensa. Nʼalyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
”Kubanga Mukama aliragira bamalayika be bakukuume mu makubo go gonna. Balikuwanirira mu mikono gyabwe; oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
”Mukama afuga, amawanga gakankane; atuula wakati wa bakerubi, ensi ekankane.
”Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be, mmwe abʼamaanyi abakola kyʼagamba, era abagondera ekigambo kye. Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge agʼomu ggulu, mmwe abaweereza be abakola byʼayagala.
”Afuula empewo ababaka be, nʼennimi zʼomuliro ogwaka abaweereza be.
”Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be, mumutendereze mmwe mwenna eggye lye eryʼomu ggulu.
”Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe empanvu ngʼagulumizibbwa, nʼekirenge kyʼekyambalo kye nga kijjula yeekaalu. Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ngʼalina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, nʼebibiri ngʼabibuusa. Buli omu yali ngʼayogera ne munne nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.” Nʼemisingi gyʼemiryango ne ginyeenyezebwa olwʼeddoboozi lyʼoyo eyali akoowoola mu ddoboozi eryʼomwanguka, yeekaalu nʼejjula omukka. Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu owʼemimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu abʼemimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama Katonda owʼEggye!” Olwo omu ku basseraafi nʼalyoka abuuka nʼajja gye ndi ngʼalina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne nnamagalo. Era nʼalikomya ku kamwa kange, nʼagamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era nʼekibi kyo kikusonyiyiddwa.”
”Ayi Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obwʼomu nsi, ggwe wakola eggulu nʼensi.
”“Kubanga nzija kulwanirira ekibuga kino nkirokole.” Awo malayika wa Mukama nʼafuluma nʼatta mu lusiisira olwʼAbasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo.
”Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ngʼava mu bukiikakkono, nʼekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ngʼawali ekyuma ekimasamasa. Wakati mu muliro mwalabika ngʼomwali ebiramu ebina, nga birina ekifaananyi kyʼomuntu. Buli kimu kyalina obwenyi buna, nʼebiwaawaatiro bina. Amagulu gaabyo gaali magolokofu, nʼebigere byabyo nga bifaanana ekigere kyʼennyana, era nga bitangalijja ngʼekikomo ekizigule. Byalina engalo ezʼomuntu wansi wʼebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo ennya. Byonna ebina byalina obwenyi nʼebiwaawaatiro, era ebiwaawaatiro byabyo nga bisonga waggulu, buli kiwaawaatiro nga kikoona ku kinnaakyo. Buli kimu kyatambula nga kiraga mu maaso, nga tekikyuse kutunula mabega. Obwenyi bwabyo bwafaanana bwe buti: Buli kimu kyalina ekyenyi ekyʼomuntu, oluuyi olwa ddyo olwa buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi ekyʼempologoma, nʼoluuyi olwa kkono ku buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi ekyʼente, ate nga birina nʼekyenyi kyʼemunyungu. Ebyenyi byabyo nʼebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluze nga bitunudde waggulu. Buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, buli kiwaawaatiro nga kikona ku kinnaakyo, ebibiri ebirala nga bibisse ku mibiri gyabyo. Buli kimu kyali kitunudde gye kyali kiraga. Omwoyo gye yalaganga nabyo gye byalaganga, ne bitakyuka kudda mabega. Endabika eyʼebiramu ebyo yafaanana ngʼomuliro ogwaka ogwʼamanda oba omuliro ogwʼomumuli. Omuliro gwavanga mu maaso nʼemabega, nga gwakaayaakana era nga gumyansa. Ebiramu byetawulanga ngʼokumyansa okwʼeggulu.
”Bwe nnali nga nkyali ku ebyo, ne ndaba zinnamuziga ku ttaka emabbali wa buli kiramu, nʼebyenyi byabyo ebina. Endabika eya zinnamuziga nʼokukolebwa kwazo kwali nga berulo, zonna nga zifaanana. Buli emu yafaanana nga nnamuziga ekwataganye ne ginnaayo. Era zeetoolooleranga mu njuyi zonna ennya, nga tezizinaazina ngʼebiramu bitambula. Empanka zaazo zaali mpanvu nga zitiisa, era empanka ennya zonna nga zijjuddemu amaaso. Ebiramu bwe byaseeseetukanga, zinnamuziga zaabyo nazo ne ziseeseetuka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva mu ttaka zinnamuziga nazo ne zigolokoka. Omwoyo buli gye yabanga agenda, gye byagendanga, ne zinnamuziga ne zisitukira wamu nazo, kubanga omwoyo eyali mu biramu ye yabanga ne mu zinnamuziga. Ebiramu bwe byaseeseetukanga, nazo ne ziseeseetuka, ebiramu bwe byasitukanga, nazo ne zisituka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva ku ttaka, ne zinnamuziga ne zigolokokera wamu nazo, kubanga omwoyo owʼebiramu yabanga mu zinnamuziga.
”Waggulu wʼemitwe gyʼebiramu waliwo ekifaananyi ekyʼekifo ekigazi, ekyatemagananga ngʼomuzira. Wansi wʼekifo ekyo ekigazi ebiwaawaatiro byabyo byali bigolole, nga bituukagana, buli kiramu nga kirina ebiwaawaatiro bibiri ebyabikkanga emibiri gyabyo. Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kwʼebiwaawaatiro byabyo, ngʼokuwuuma kwʼamazzi amangi, ngʼeddoboozi lya Ayinzabyonna, ngʼoluyoogaano lwʼeggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo. Awo ne wawulikika eddoboozi okuva waggulu wʼekifo ekigazi waggulu wʼemitwe gyabyo, bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo.
”Okuwuuma okwʼebiwaawaatiro byʼebiramu nga bikuubagana, nʼokuwuuma kwa zinnamuziga ku mabbali gaabyo kwali ngʼokuwuluguma okwʼamaanyi.
”Ne ntunula, laba, ekifaananyi ekyʼentebe eyʼobwakabaka eya safiro nga kiri waggulu wʼekibangirizi wʼemitwe gya bakerubi. Mukama nʼagamba omusajja ayambadde linena nti, “Genda wakati wa zinnamuziga wansi wa bakerubi, otoole amanda mu mukono gwo okuva wakati mu bakerubi, ogasaasaanye mu kibuga.” Nʼayitawo nga ntunula. Bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olwʼObukiikaddyo obwa yeekaalu; omusajja bwe yayingira ekire ne kijjula mu luggya olwʼomunda. Awo ekitiibwa kya Mukama ne kyambuka okuva waggulu wa bakerubi ne kidda mu mulyango gwa yeekaalu. Ekire ne kijjula mu yeekaalu, nʼoluggya ne lujjula okumasamasa okwʼekitiibwa kya Mukama. Nʼokuwuuma kwʼebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulikika wala mu luggya olwʼebweru, ngʼeddoboozi lya Mukama owʼEggye bwe liwulikika ngʼayogedde. Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde linena nti, “Toola omuliro okuva mu zinnamuziga, wakati mu bakerubi,” omusajja nʼayingira nʼayimirira ku mabbali ga nnamuziga emu. Awo omu ku bakerubi nʼagolola omukono gwe eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi, nʼaddira ogumu ku gwo, nʼaguteeka mu ngalo ezʼomusajja ayambadde linena, eyagutwala nʼafuluma. Wansi wʼebiwaawaatiro bya bakerubi waalabika ngʼawaali emikono gyʼomuntu.
”Ne ndaba zinnamuziga nnya ku mabbali ga bakerubi buli nnamuziga ngʼeriraanye kerubi, zinnamuziga nga ziyakaayakana ngʼejjinja erya berulo. Mu ndabika nga zifaanagana, nnamuziga emu ngʼeri ngʼetudde mu ginnaayo. Mu kuseeseetuka, zaaseeseetukanga mu njuyi nnya bakerubi gye baatunulanga, era zinnamuziga zʼomu maaso gye zaayiringitiranga, nʼendala zonna gye zaayiringitiranga. Omubiri gwabwe gwonna, nʼemigongo gyabwe, nʼemikono gyabwe, nʼebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga, nga zijjudde amaaso enjuuyi zonna. Ne mpulira zinnamuziga nga ziyitibwa “ezeetooloola eziwulukuka.” Buli emu ku zo yalina obwenyi buna: obwenyi obwʼolubereberye bwali bwa kerubi, obwokubiri nga bwa musajja, obwokusatu nga bwa mpologoma, obwokuna nga bwa mpungu. Awo bakerubi ne basituka. Bye biramu bye nalaba ku mabbali gʼomugga Kebali. Bakerubi bwe baaseeseetukanga, zinnamuziga ezaali ku mabbali ne ziseeseetukira wamu nabo; bakerubi bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okusituka okuva ku ttaka, zinnamuziga nazo tezaavanga ku lusegere. Bakerubi bwe baayimiriranga, nazo ne ziyimirira; bakerubi bwe baasitukanga, nnamuziga ne zisitukira wamu nabo, kubanga omwoyo owʼebiramu yali mu zo.
”Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiva ku mulyango gwa yeekaalu ne kiyimirira waggulu wa bakerubi. Ne ndaba bakerubi nga bayanjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne basituka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga nazo ne zigendera ku mabbali gaabwe. Ne bayimirira awayingirirwa ku luggi olwʼebuvanjuba olwa yeekaalu ya Mukama, nʼekitiibwa kya Katonda owa Isirayiri nga kiri waggulu waabwe. Era ebyo bye biramu bye nalaba wansi wa Katonda wa Isirayiri ku mugga Kebali, olwo ne ntegeera nga bakerubi. Buli omu yalina obwenyi buna ne biwaawaatiro bina, ne wansi wʼebiwaawaatiro byabwe nga waliyo ebyali ngʼemikono gyʼomuntu. Obwenyi bwabwe bwanfaananira nga buli bwe nalaba ku mugga Kebali. Buli omu nʼatambula nʼagenda mu maaso.
”Awo bakerubi, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ngʼekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kibali waggulu.
”Awo abasajja abo abasatu Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka omuliro nga basibiddwa. Awo Kabaka Nebukadduneeza, mu kwewuunya nʼagolokoka mangu nʼabuuza abakungu be nti, “Mu muliro tetwasuddemu abasajja basatu nga basibiddwa?” Ne bamuddamu nti, “Bwe kyabadde, ayi kabaka.” Nʼayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so nʼowookuna ngʼafaanana ngʼomwana wa bakatonda.” Nebukadduneeza nʼalyoka asembera ku mulyango gwʼekikoomi ekyaka omuliro, nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego, abaddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, mufulume mujje wano.” Awo Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne bava mu muliro. Abaamasaza, nʼabemiruka, nʼabafuzi abʼebitundu, nʼabakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ngʼomuliro tegubookezza, so nʼenviiri zaabwe nga tezisiridde, so nʼengoye zaabwe nga tezookeddwa, so nʼolusu lwʼomuliro nga terubawunyako. Nebukadduneeza nʼayogera nti, “Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we nʼalokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo.
”“Awo mu kiseera ekyo nga ngalamidde ku kitanda kyange, mu kwolesebwa, ne ndaba omubaka omutukuvu ngʼava mu ggulu.
”“ ‘Omusango ogwo gulangiriddwa ababaka, abatukuvu be baasanguza ekisaliddwawo, abalamu balyoke bategeere ngʼOyo Ali Waggulu Ennyo yʼafuga obwakabaka bwʼabantu, era abuwa buli gwʼasiima, era alonda abantu abasemberayo ddala okuba aba wansi okubafuga.’ ”
”Katonda wange yatumye malayika we, nʼaziba emimwa gyʼempologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.”
”Omugga gwʼomuliro nga gukulukuta, nga gukulukutira awo mu maaso ge. Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga, nʼemitwalo nʼemitwalo baayimiriranga mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kutandika, ebitabo ne bibikkulwa.
”Ne mpulira eddoboozi lyʼomusajja emitala wʼomugga Ulaayi, eryakoowoola, ne lyogera nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu gʼokwolesebwa okwo.” Awo nʼasembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye nʼaŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana wʼomuntu, ngʼokwolesebwa, kwogera ku biro ebyʼenkomerero.”
”awo mu kiseera ekyo nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri, gwe nalaba mu kwolesebwa okwasooka, nʼajja gye ndi mu mbuyaga eyʼamaanyi mu kiseera ekya ssaddaaka eyʼakawungeezi. Nʼaŋŋamba nti, “Danyeri, kaakano nzize okukuwa amagezi nʼokutegeera.
”Ne wabaawo omukono ogunkwatako, emikono gyange nʼamaviivi gange ne bitanula okujugumira. Nʼaŋŋamba nti, “Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera era osseeyo omwoyo ku bigambo bye njogera naawe, era yimuka oyimirire kubanga ntumiddwa gyʼoli.” Awo bwe yayogera ebigambo ebyo gye ndi ne nnyimirira nga nkankana. Nʼalyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olwʼebigambo byo. Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana nʼomulangira wʼe Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu nʼajja nʼannyamba, kubanga kabaka wʼe Buperusi yali ankwatidde eyo. Kaakano nzize okukunnyonnyola ebigenda okutuuka ku bantu bo mu biro ebyʼomu maaso; kubanga bye wayolesebwa byogera ku biro ebigenda okujja.”
”Awo bwe yali ngʼakyambuulira ebyo, ne nkutama, ne ntunuza amaaso gange wansi, ne nsirika. Awo ne wajja eyafaanana ngʼomuntu nʼakoma ku mimwa gyange, ne ntanula okwogera. Ne ŋŋamba eyali annyimiridde mu maaso nti, “Mukama wange nzijjudde obuyinike, era nʼamaanyi sirina olwʼebyo bye njolesebbwa. Nnyinza ntya nze omuddu wo okwogera naawe ggwe mukama wange? Amaanyi gampweddemu, sikyayinza na kussa bulungi mukka.” Nate eyafaanana ngʼomuntu nʼankomako nʼanzizaamu amaanyi. Nʼaŋŋamba nti, “Ggwe omwagalwa ennyo, totya. Emirembe gibeere gyʼoli, guma omwoyo era beera nʼobuvumu.” Awo bwe yayogera nange, ne nziramu amaanyi, ne njogera nti, “Yogera mukama wange, kubanga onzizizzaamu amaanyi.” Nʼalyoka ayogera nti, “Ekindeese gyʼoli okimanyi? Mu bbanga eritali lyʼewala, nzija kuddayo okulwanyisa omulangira owʼe Buperusi, era bwe ndimuwangula, omulangira owʼe Buyonaani alijja. Naye okusooka byonna, ka nkutegeeze ebyawandiikibwa ebiri mu kitabo ekya mazima: Tewali nʼomu ambeera okuggyako Mikayiri, omulangira wammwe abakuuma.
”“Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera ekyʼokubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kwʼamawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa.
”Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni. Nʼakagombe akʼokulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu. Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olwʼentiisa, kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde, era lunaatera okutuuka. Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olwʼekizikiza; olunaku olwʼebire ebingi nʼekizikiza ekikutte. Eggye eryʼenzige eryʼamaanyi ennyo, ngʼeryʼabantu abalwanyi abʼekitalo, libuutikidde ensozi. Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna ebyʼedda, era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo. Enzige ezikulembedde zirya ngʼomuliro ogwokya buli wantu, nʼezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ngʼennimi zʼomuliro. Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ngʼennimiro ya Adeni, naye gye ziva buli kimu zikiridde; ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere. Zifaanana ngʼembalaasi, era zidduka ngʼembalaasi ezʼentalo. Zigenda zibuuka ku nsozi nga zikekera ngʼamagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera; ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ngʼomuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga ziri ngʼeggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe. Abantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi, era bonna beeraliikirivu. Zirumba nʼamaanyi ngʼeggye eryʼabalwanyi, ne ziwalampa ebisenge ngʼabajaasi. Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi awatali kuwaba nʼakamu. Tezirinnyaganako, buli emu ekumbira mu kkubo lyayo. Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna, ne watabaawo kisobola kuziziyiza. Zifubutuka ne zigwira ekibuga. Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo. Zirinnya amayumba ne ziyingirira mu madirisa ngʼababbi bwe bakola. Zikankanya ensi era nʼeggulu ne lijugumira. Zibuutikira enjuba nʼomwezi, era nʼemmunyeenye tezikyayaka. Mukama akulembera eggye lye nʼeddoboozi eribwatuuka. Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi. Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi. Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu era lwa ntiisa nnyo. Ani ayinza okulugumira?
”Nalaba ekiro ngʼomusajja yeebagadde embalaasi emyufu era yali ayimiridde mu miti emikadasi mu kiwonvu. Emabega we waaliyo embalaasi endala, enjeru, nʼeza kikuusikuusi, nʼemyufu. Awo ne mbuuza nti, “Mukama wange bino bitegeeza ki?” Malayika eyali ayogera nange nʼaŋŋamba nti, “Nzija kukulaga kye bitegeeza.” Awo omusajja eyali ayimiridde mu miti nʼaddamu nti, “Ezo embalaasi Mukama zʼasindise okulawuna ensi.” Ne ziddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde mu miti nti, “Tubunye ensi yonna, era laba ensi yonna esiriikiridde teriimu kanyego eteredde mirembe.” Awo malayika wa Mukama nʼagamba nti, “Ayi Mukama owʼEggye, olituusa ddi obutakwatirwa Yerusaalemi nʼebibuga bya Yuda kisa, byʼosunguwalidde okumala emyaka ensanvu?” Mukama nʼalyoka addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo ebizzaamu amaanyi. Awo malayika eyali ayogera nange nʼagamba nti, “Langirira ogambe nti, Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, ‘Yerusaalemi ne Sayuuni mbikwatiririddwa obuggya obwʼamaanyi,
”Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, omusajja ngʼalina mu mukono gwe olukoba olupima. Ne mubuuza nti, “Ogenda wa?” Nanziramu nti, “Ŋŋenda kupima Yerusaalemi okulaba obuwanvu nʼobugazi bwakyo.” Awo malayika eyali ayogera nange nʼagenda, malayika omulala nʼamusisinkana. Nʼamugamba nti, “Dduka ogambe omuvubuka oyo nti, ‘Yerusaalemi kijja kuba ekibuga ekitaliiko bbugwe olwʼobungi bwʼabantu nʼebisibo ebinaabeeramu. Nze ndiba bbugwe owʼomuliro, okukyebungulula enjuuyi zonna era nze ndiba ekitiibwa kyakyo mu kyo,’ bwʼayogera Mukama.
”Awo nʼanjolesa Yoswa, kabona asinga obukulu, ngʼayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ngʼayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo okumulumiriza. Mukama nʼagamba Setaani nti, “Mukama akunenye ggwe Setaani, weewaawo Mukama eyeerondedde Yerusaalemi akunenye! Omusajja ono si kisiki ekyaka ekigibbwa mu muliro?” Awo Yoswa yali ayimiridde mu maaso ga malayika ngʼayambadde ebyambalo ebijjudde ekko. Malayika nʼagamba abaali bayimiridde mu maaso ge nti, “Mumwambulemu ebyambalo bye ebijjudde ekko.” Nʼagamba Yoswa nti, “Laba nkuggyeeko ekibi kyo, era nnaakwambaza ebyambalo ebyʼomuwendo.” Ne njogera nti, “Mumusibe ekiremba ekitukula ku mutwe gwe.” Awo ne bamusiba ekiremba ekitukula ku mutwe, ne bamwambaza nʼengoye, nga malayika wa Mukama ayimiridde awo. Malayika wa Mukama nʼakuutira nnyo Yoswa ngʼayogera nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, ‘Bwʼonootambuliranga mu makubo gange, era noonywezanga bye nkukuutira, kale, onoofuganga ennyumba yange era onoolamulanga mu mbuga zange, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano.
”Ne ndyoka mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino bitegeeza ki mukama wange?” Malayika nʼanziramu nti, “Ezo zʼempewo ennya ezʼomu ggulu; ziva kweyanjula mu maaso ga Mukama owʼensi yonna.
”Naye bwe yali ngʼagalamidde ku kitanda kye ngʼakyabirowoozaako, nʼafuna ekirooto; nʼalaba malayika wa Mukama ngʼayimiridde wʼali, nʼamugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lwʼalina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga yʼalirokola abantu bonna mu bibi byabwe.” Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ngʼayita mu nnabbi we ngʼagamba nti, “Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa ‘Emmanweri,’ amakulu gaalyo nti, ‘Katonda ali naffe.’ ” Yusufu bwe yazuukuka, nʼakola nga Malayika bwe yamulagira, nʼatwala Maliyamu okuba mukazi we.
”Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama nʼalabikira Yusufu mu kirooto nʼamugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ngʼayagala okumutta.”
”Kerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama nʼalabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, nʼamugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.”
”Nʼamugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda weesuule wansi kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliweereza bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.’ ”
”Setaani nʼamuviira nʼagenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.
”Omulabe eyasiga ensigo ezʼomuddo ye Setaani, amakungula yʼenkomerero yʼensi nʼabakunguzi be bamalayika. “Noolwekyo ngʼomuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero yʼensi. Omwana wʼOmuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, nʼabajeemu, babasuule mu nkoomi yʼomuliro. Omwo mwe muliba okukaaba nʼokuluma obujiji.
”Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero yʼensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu nʼababi. Ababi balibasuula mu nkoomi yʼomuliro eriba okukaaba nʼokuluma obujiji.”
”Kubanga Omwana wʼOmuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ngʼebikolwa bye bwe byali.
”“Mwekuume obutanyoomanga nʼomu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti Bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
”Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu.
”Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi eryʼomwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olwʼeggulu okutuuka ku ludda olulala.”
”“Tewali nʼomu amanyi lunaku wadde essaawa enkomerero wʼerituukira. Ne bamalayika abʼomu ggulu nabo tebakimanyi, newaakubadde Omwana naye takimanyi wabula Kitaffe yekka.
”“Omwana wʼOmuntu bwʼalijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe eyʼekitiibwa kye.
”Tomanyi nti Nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira?
”Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ngʼokwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu nʼayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gwʼentaana, nʼalituulako. Amaaso ge gaali gamasamasa ngʼokumyansa kwʼeraddu, nʼekyambalo kye nga kyeru ekitukula be tukutuku. Abakuumi bwe baamulaba, ne bakankana nga batidde nnyo ne bagwa wansi ne baba ngʼabafudde. Awo malayika nʼagamba abakazi nti, “Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa, wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa. Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era agenda Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”
”Nʼamalayo ennaku amakumi ana ngʼali nʼensolo ezʼomu nsiko, ngʼakemebwa Setaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza.
”Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, nʼebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana wʼOmuntu alimukwatirwa ensonyi bwʼalijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”
”Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebagenda kufumbiriganwa, kubanga bonna baliba nga bamalayika bwe bali mu ggulu.
”Era alituma bamalayika okukuŋŋaanya abalonde be okuva eri empewo ennya, nʼokuva ensalo zʼensi gye zikoma okutuuka ensalo zʼeggulu gye zikoma.”
”“Naye ebyʼolunaku olwo oba ekiseera ekyo tewali nʼomu abimanyi, newaakubadde bamalayika mu ggulu wadde Omwana okuggyako Kitaffe.
”Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ngʼayambadde engoye enjeru, ngʼatudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo! Naye nʼabagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa. Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ”
”Awo malayika wa Mukama nʼalabikira Zaakaliya, nʼayimirira ku luuyi olwa ddyo olwʼekyoto okwoterezebwa obubaane! Zaakaliya nʼatya nnyo bwe yalaba malayika, entiisa nʼemukwata. Naye malayika nʼamugamba nti, “Totya Zaakaliya! Kubanga okusaba kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erisabesi ajja kukuzaalira omwana wabulenzi. Olimutuuma erinnya Yokaana. Mwembi mulisanyuka nnyo ne mujaguza. Era bangi abalibasanyukirako olwʼokuzaalibwa kwe. Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ngʼakyali mu lubuto lwa nnyina. Era alireetera abaana ba Isirayiri bangi okudda eri Mukama Katonda waabwe. Aliweerereza mu mwoyo ne mu maanyi aga nnabbi Eriya, nʼakyusa emitima gyʼaba kitaabwe okudda eri abaana baabwe, nʼokukyusa emitima gyʼabajeemu okudda eri amagezi gʼabatuukirivu alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.” Zaakaliya nʼagamba malayika nti, “Ekyo nnaakimanya ntya? Kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange naye akaddiya nnyo.” Malayika nʼamugamba nti, “Nze Gabulyeri ayimirira mu maaso ga Katonda, era yʼantumye okwogera naawe nʼokukuleetera amawulire gano. Naye olwʼokuba nga tokkirizza bigambo byange, ojja kuziba omumwa, era togenda kuddamu kwogera okutuusa ngʼebintu ebyo bimaze okubaawo. Kubanga ebigambo byange byonna birimala kutuukirira mu kiseera kyabyo.”
”Awo mu mwezi ogwʼomukaaga, Katonda nʼatuma malayika Gabulyeri mu kibuga Nazaaleesi ekyʼomu Ggaliraaya eri omuwala erinnya lye Maliyamu, nga tamanyi musajja, eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu, owʼomu lulyo lwa Dawudi. Awo Gabulyeri nʼalabikira Maliyamu nʼamulamusa nti, “Mirembe! Ggwe aweereddwa omukisa! Mukama ali naawe!” Maliyamu nʼatya, nʼabulwa nʼekyokwogera, ngʼokulamusa okwo kumutabudde, nga nʼamakulu gaakwo tagategeera. Awo malayika nʼamugamba nti, “Totya, Maliyamu, kubanga olabye ekisa mu maaso ga Katonda. Kubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu. Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana wʼOyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe eyʼobwakabaka eya jjajjaawe Dawudi. Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era nʼobwakabaka bwe tebulikoma.” Awo Maliyamu nʼabuuza malayika nti, “Ekyo kiriba kitya? Kubanga simanyi musajja.” Malayika nʼamuddamu nti, “Mwoyo Mutukuvu alikukkako, nʼamaanyi gʼOyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, nʼomwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda. Laba, muganda wo Erisabesi eyayitibwanga omugumba, kati ali lubuto lwa myezi mukaaga mu bukadde bwe. Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.” Maliyamu nʼaddamu nti, “Nze ndi muweereza wa Mukama, kibe ku nze nga bwʼogambye.” Malayika nʼava wʼali, nʼagenda.
”Mu kiro ekyo waaliwo abasumba abaali mu kitundu ekyo kye kimu ku ttale nga bakuuma endiga zaabwe. Awo malayika wa Mukama nʼabalabikira, ne waakaayakana nʼekitiibwa kya Mukama, ne batya nnyo. Malayika nʼabagumya nti, “Temutya, kubanga mbaleetedde amawulire amalungi agʼessanyu eringi, era nga ga bantu bonna. Kubanga Omulokozi, ye Kristo Mukama waffe azaaliddwa leero mu kibuga kya Dawudi. Ku kino kwe munaamutegeerera: Mujja kulaba omwana omuwere, ngʼabikkiddwa mu ngoye, ngʼazazikiddwa mu lutiba lwʼente.” Amangwago eggye lya bamalayika abʼomu ggulu ne beegatta ne malayika oyo ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali Waggulu ennyo. Nʼemirembe gibe mu nsi eri abantu Katonda bʼasiima.” Awo bamalayika bwe baamala okuddayo mu ggulu, abasumba ne bateesa nti, “Tugende e Besirekemu tulabe kino ekibaddewo, Mukama kyʼatutegeezezza.”
”Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliragira bamalayika be bakukuume. Era balikuwanirira mu mikono gyabwe, oleme okwerumya nga weekonye ekigere kyo ku jjinja.’ ”
”Buli alinkwatirwa ensonyi, nze nʼebigambo byange, nʼOmwana wʼOmuntu, alimukwatirwa ensonyi, bwʼalijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.
”“Era mbategeeza nti Buli anjatula mu maaso gʼabantu, nʼOmwana wʼOmuntu, alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda. Naye oyo anneegaanira mu maaso gʼabantu, nʼOmwana wʼOmuntu alimwegaanira mu maaso ga bamalayika ba Katonda.
”Mu ngeri yʼemu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olwʼomwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”
”Mbategeeza nti Mu ngeri yʼemu omukozi wʼebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”
”“Ekiseera kyatuuka omusajja omwavu nʼafa, bamalayika ne bamutwala mu kifuba kya Ibulayimu. Oluvannyuma nʼomugagga naye nʼafa, nʼaziikibwa.
”era tebaddayo kufa nate, kubanga baba nga bamalayika. Era baba baana ba Katonda kubanga baba bazuukizibbwa mu bulamu obuggya,
”Awo malayika eyava mu ggulu nʼajja nʼamugumya.
”Ne bayimirira awo nga babuliddwa ekyʼokukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe ngʼabambadde engoye ezimasamasa. Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana? Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti, ‘Omwana wʼOmuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gyʼabantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’”
”naye omulambo gwe tebaagusanzeemu. Bwe baakomyewo baatugambye nti bayolesebbwa ba bamalayika abaabagambye nti Mulamu!
”Ddala ddala nkugamba nti Oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana wʼOmuntu.”
”Munda mu Yerusaalemi, okumpi nʼOmulyango gwʼEndiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola. Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe bʼamaaso, nʼabakoozimbye. Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama nʼajja nʼatabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ngʼamazzi gaakatabulwa, ngʼawonyezebwa.
”Maliyamu Magudaleene yali ayimiridde wabweru wʼentaana ngʼakaaba. Nʼakutama. Nʼalingiza mu ntaana nga bwʼakaaba, nʼalaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye enjeru nga batudde; omu emitwetwe nʼomulala emirannamiro wʼekifo omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa. Bamalayika ne bamubuuza nti, “Omukyala, okaabira ki?” Nʼabaddamu nti, “Kubanga baggyeemu Mukama wange, era simanyi gye bamutadde!”
”Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba. Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ngʼagenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika, ne boogera nti, “Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako nʼatwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri yʼemu nga bwe mumulabye ngʼagenda mu ggulu.”
”Ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera lyʼabantu bonna. Naye mu kiro, malayika wa Mukama nʼajja nʼaggulawo enzigi zʼekkomera nʼabafulumya, nʼabagamba nti, “Mugende muyimirire mu Yeekaalu mutegeeze abantu bonna ebigambo ebyʼobulamu buno.”
”Mmwe mwaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika naye ne mutagagondera.”
”Awo malayika wa Mukama nʼagamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.”
”Lwali lumu ku ssaawa nga mwenda ezʼolweggulo, nʼayolesebwa, nʼalabira ddala malayika wa Katonda ngʼajja gyʼali, nʼamuyita nti, “Koluneeriyo!” Koluneeriyo nʼamutunuulira enkaliriza ngʼatidde nnyo. Nʼamubuuza nti, “Mukama wange, ogamba ki?” Malayika nʼamuddamu nti, “Katonda awulidde okusaba kwo era alabye nga bwʼogabira abaavu bwʼatyo nʼakujjukira.
”Peetero nʼakuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa nʼenyiikira nnyo okumusabira eri Katonda. Ekiro ekyo, ngʼenkeera Kerode ategese okuwaayo Peetero, Peetero yali yeebase wakati wʼabaserikale babiri, ngʼasibiddwa nʼenjegere bbiri, nga ne ku mulyango gwʼekkomera kuliko abakuumi. Laba malayika wa Mukama nʼayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika nʼakuba ku Peetero mu mbiriizi nʼamuzuukusa ngʼamugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi. Malayika nʼamugamba nti, “Weesibe olukoba lwo, oyambale nʼengatto zo.” Peetero nʼakola nga bwʼagambiddwa. Malayika nʼamugamba nti, “Kale, yambala omunagiro gwo ongoberere.” Awo Peetero nʼagoberera malayika. Naye ekiseera kino kyonna ngʼalowooza nti alabye kwolesebwa, nga tayinza kukitegeera nti byonna ebyali bimutuukako mu kaseera ako byaliwo ddala. Ne bayita ku bakuumi abasooka nʼabookubiri ne batuuka ku luggi olunene olwʼekyuma olufuluma mu kkomera nga luggukira mu kibuga. Luno ne lweggulawo lwokka, ne bayitamu. Bwe baatambulako akabanga mu luguudo mu kibuga, amangwago malayika nʼamuleka.
”Awo Peetero bwe yeddamu nʼalyoka ategeera bwe bibadde, nʼagamba nti, “Ntegeeredde ddala nga Mukama yatumye malayika we nʼanziggya mu mukono gwa Kerode, era nʼamponya nʼebyʼakabi byonna Abayudaaya bye babadde bantegekedde.” Bwe yamala okukakasa ebyo munda ye, nʼatambula nʼalaga mu maka ga Maliyamu nnyina wa Yokaana Makko, abantu bangi gye baali bakuŋŋaanidde nga basaba. Awo Peetero nʼakonkona ku luggi olunene olwʼebweru, omuwala omuweereza erinnya lye Looda nʼajja okuggulawo. Naye bwe yategeera nga ddoboozi lya Peetero essanyu ne limuyitirira, nʼadduka buddusi nga nʼoluggi talugguddeewo, nʼategeeza abaali mu nju nti, “Peetero ali wabweru ku luggi!” Naye abaali mu nju ne bamuddamu nti, “Oguddemu akazoole.” Naye ne yeyongera okulumiriza nti kyʼagamba bwe kiri. Ne bagamba nti, “Oyo malayika we.” Naye Peetero nʼayongera okukonkona. Oluvannyuma ne bagenda ne baggulawo oluggi, ne bamulaba. Ne basamaalirira nnyo.
”Awo olunaku olwategekebwa bwe lwatuuka, Kerode nʼayambala eminagiro gye egyʼobwakabaka nʼatuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka, nʼayogera eri ababaka nʼabantu bonna. Abantu bonna ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Lino ddoboozi lya Katonda so si lya muntu!” Amangwago malayika wa Mukama nʼamubonereza, nʼajjula envunyu yenna, ne zimulya nʼafa, kubanga yakkiriza abantu ne bamusinza, nʼatawa Katonda kitiibwa.
”kubanga Abasaddukaayo bagamba nti Tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza.
”Kubanga ekiro ekyayise, malayika wa Katonda wange gwe mpeereza, yayimiridde we ndi, nʼaŋŋamba nti, ‘Totya, Pawulo, kubanga kikugwanira okuyimirira mu maaso ga Kayisaali owozesebwe, era laba, Katonda akuwadde obuvunaanyizibwa ku abo bonna bʼoli nabo mu kyombo.’
”Temumanyi nga ffe tulisalira bamalayika omusango, okwo nga totaddeeko bintu bya mu bulamu buno?
”Kale olwʼensonga eyo, omukazi kimusaanira okubikkanga ku mutwe gwe, okulaga nti Afugibwa era ne bamalayika bakirabe.
”Singa njogera ennimi zʼabantu nʼeza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ngʼekidde, ekireekaana oba ngʼekitaasa ekisaala.
”Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bwʼabuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga.
”Omuntu yenna tabalimbalimbanga nʼabanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okwʼobulimba nʼokuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ngʼanywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obwʼamagezi agʼomubiri gwe.
”Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu nʼeddoboozi eryʼomwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, nʼekkondeere lya Katonda, nʼabo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira,
”Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde?” Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gyʼali naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”
”Era nate bwʼaleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti, “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”
”Era ayogera ku bamalayika nti, “Afuula bamalayika be ngʼempewo, nʼafuula nʼabaweereza be ngʼennimi zʼomuliro.”
”Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti, “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo, ne bafuuka entebe yʼebigere byo”? Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.
”Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika. Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti, “Omuntu kye ki ggwe okumujjukira? Oba Omwana wʼOmuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo? Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono, wamutikkira engule eyʼekitiibwa nʼettendo,
”Kubanga ekyʼamazima kiri nti tayamba bamalayika, ayamba zzadde lya Ibulayimu.
”Ku kisaanikira kyʼessanduuko nga kuliko bakerubbi abʼekitiibwa nga basiikirizza entebe eyʼokusaasira; ebintu ebyo tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.
”Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne mu kibuga kya Katonda omulamu, mu Yerusaalemi ekyʼomu ggulu nʼeri enkumi nʼenkumi ezʼabamalayika abakuŋŋaanye, nʼeri ekkanisa eyʼabo abaasooka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu ggulu, nʼeri Katonda Omulamuzi wa bonna, nʼeri emyoyo egyʼabantu abaatukirizibwa,
”Temwerabiranga kusembeza bagenyi, kubanga waliwo abaasembeza bamalayika nga tebagenderedde.
”Bannabbi bano Katonda yabalaga nti Ebyo tebabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. Era kaakano Enjiri ebuuliddwa gye tuli ffenna. Yatubuulirwa mu maanyi ga Mwoyo Mutukuvu eyava mu ggulu. Bino byʼebintu ne bamalayika bye bayaayaanira okutegeera.
”eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼafuga bamalayika nʼaboobuyinza, nʼabaamaanyi abʼomu ggulu.
”Kyokka bo bamalayika newaakubadde be basinga abayigiriza abo amaanyi nʼobuyinza, bwe batwala ensonga ezo eri Mukama waffe tebakozesa lulimi luvuma.
”Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi abʼobulimba bangi mu nsi. Eno yʼengeri gye tutegeeramu Mwoyo wa Katonda: buli ayatula nti Yesu Kristo yafuuka omubiri, ngʼava eri Katonda, oyo yʼalina Mwoyo wa Katonda.
”Kale newaakubadde nga Mikayiri, ye malayika asinga obukulu, naye bwe yali akaayana ne Setaani ku mulambo gwa Musa, teyamuvuma wabula yagamba bugambi nti, “Mukama akunenye!”
”Ka nkubuulire amakulu gʼemmunyeenye omusanvu zʼolabye mu mukono gwange ogwa ddyo, era nʼebikondo ebyʼettaala ebya zaabu omusanvu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika bʼEkkanisa omusanvu, ate ebikondo byʼettaala eza zaabu omusanvu ze Kkanisa omusanvu.”
”Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo kyʼobulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti Oyo muntu wange.
”Entebe eyʼobwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe. Mu ntebe eyo eyʼobwakabaka ne muvaamu okumyansa nʼamaloboozi nʼokubwatuka. Mu maaso gʼentebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gyʼemyoyo omusanvu egya Katonda.
”Ne mu maaso gʼentebe eyo waaliwo ekiri ngʼennyanja eyʼendabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi nʼemabega waabyo nga biri wakati wʼentebe eyʼobwakabaka nʼokugyetooloola. Ekisooka ku biramu bino kyali ngʼempologoma, ekyokubiri nga kifaanana ngʼennyana, nʼekyokusatu kyalina amaaso ngʼagʼomuntu, nʼekyokuna kyali ngʼempungu, ebuuka. Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana nʼekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti, “Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna, Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.” Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa nʼettendo nʼokwebaza, Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso gʼOyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, omulamu emirembe nʼemirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso gʼentebe eyo, nga bwe bagamba nti, “Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa nʼettendo nʼobuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”
”Ne ndaba malayika owʼamaanyi ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼabuuza nti, “Ani asaanidde okubembulula obubonero obusibiddwa ku muzingo gwʼekitabo guno alyoke aguzingulule?”
”Ne ndaba nga ali ngʼOmwana gwʼEndiga ngʼattiddwa ngʼayimiridde wakati wʼentebe eyʼobwakabaka nʼebiramu ebina, ne wakati wʼabakadde, ngʼalina amayembe musanvu nʼamaaso musanvu, gyʼemyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu ekyʼensi. Nʼasembera nʼaggya omuzingo gwʼekitabo mu mukono ogwa ddyo ogwʼOyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka. Bwe yagukwata, ebiramu ebina nʼabakadde amakumi abiri mu abana, ne bagwa mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga ne bavuunama, buli omu ngʼalina ennanga era ngʼakutte ekibya ekya zaabu, ekyali kijjudde obubaane obwakaloosa nga butegeeza okusaba kwʼabantu abatukuvu.
”Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi nʼenkumi, nʼenkuyanja nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka awamu nʼebiramu biri nʼabakadde bali. Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omwana gwʼEndiga eyattibwa, asaanidde okuweebwa obuyinza, nʼobugagga, nʼamagezi nʼamaanyi, nʼekitiibwa, nʼettendo nʼokwebazibwa!” Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi wʼensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, nʼettendo, nʼekitiibwa, nʼamaanyi byʼOyo atudde ku ntebe yʼobwakabaka awamu nʼOmwana gwʼEndiga, emirembe nʼemirembe.” Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” Nʼabakadde ne bavuunama ne bamusinza.
”Oluvannyuma lwʼebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ezʼensi, nga bakutte empewo ennya ezʼensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna. Ne ndaba malayika omulala ngʼava ebuvanjuba ngʼakutte akabonero kʼenvumbo aka Katonda omulamu, nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi nʼennyanja nti, “Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, nʼennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero kʼenvumbo ka Katonda akakulu ku byenyi byʼabaweereza ba Katonda waffe.
”Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka nʼabakadde era nʼebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ngʼebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda. Ne bayimba nti, “Amiina! Okutenderezebwa, nʼekitiibwa, nʼamagezi, nʼokwebazibwa, nʼettendo, nʼobuyinza, nʼamaanyi, bibe eri Katonda waffe emirembe nʼemirembe. Amiina!”
”Ne ndaba bamalayika omusanvu abaali bayimiridde mu maaso ga Katonda ne baweebwa amakondeere musanvu. Awo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu nʼajja nʼayimirira okuliraana ekyoto, nʼaweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu nʼokusaba kwʼabatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka. Akaloosa akalungi nʼomukka ebyava mu bubaane obutabuddwamu nʼokusaba kwʼabatukuvu ne kambuka eri Katonda nga kava mu kyoto malayika mwe yabufuka. Malayika nʼaddira ekyoterezo nʼakijjuza omuliro gwʼaggye ku kyoto nʼaguyiwa wansi ku nsi, ne wabaawo okubwatuka, nʼokuwuluguma, nʼokwakaayakana, nʼokumyansa kwʼeggulu era ne wabaawo ne musisi. Awo bamalayika omusanvu abaalina amakondeere omusanvu ne beetegeka okufuuwa amakondeere gaabwe.
”Malayika owʼolubereberye nʼafuuwa ekkondeere lye, omuzira nʼomuliro nga byetabudde nʼomusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu ekyʼensi ne kiggya omuliro, bwe kityo nʼekitundu kimu kyakusatu ekyʼemiti ne kiggya omuliro, nʼomuddo gwonna ne guggya. Malayika owookubiri nʼafuuwa ekkondeere lye, ekintu ekinene ennyo nga kifaanana ngʼolusozi olunene ennyo nga lwonna lwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja. Ekitundu ekimu ekyokusatu ekyennyanja ne kifuuka omusaayi, nʼekimu ekyokusatu ekyʼebitonde ebyʼomu nnyanja ne kifa, nʼekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼamaato ne kizikirira. Malayika owookusatu nʼafuuwa ekkondeere lye, emmunyeenye ennene eyakaayakana nʼegwa okuva mu ggulu, nʼegwa mu kitundu ekimu ekyokusatu ekyʼemigga nʼensulo zʼamazzi. Emmunyeenye eyo yali eyitibwa “Kukaawa” nʼetteeka obutwa mu kitundu ekimu ekyokusatu ekyʼamazzi gonna, abantu bangi ne bafa. Malayika owookuna nʼafuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼenjuba nʼekimu ekyokusatu ekyʼomwezi, nʼekimu ekyokusatu ekyʼemmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obwʼemisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, nʼekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, nʼomusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, nʼekizikiza ne kyeyongera bwe kityo. Ne ndaba empungu emu ngʼebuuka mu bbanga ngʼereekaana mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Zibasanze, Zibasanze, Zibasanze abantu abʼoku nsi olwʼebintu ebyʼentiisa ebinaatera okubatuukako kubanga bamalayika abasatu abasigaddeyo banaatera okufuuwa amakondeere gaabwe.”
”Awo malayika owookutaano nʼafuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ngʼeva mu ggulu ngʼegwa ku nsi era nʼeweebwa ekisumuluzo ekyʼobunnya obutakoma.
”Awo malayika owʼomukaaga nʼafuuwa ekkondeere lye, ne mpulira eddoboozi nga lyogera okuva mu mayembe ana agali ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda, nga ligamba malayika oyo owʼomukaaga nti, “Sumulula bamalayika abana abaasibirwa ku mugga omunene Fulaati.” Bamalayika abana abaali basibiddwa nga balindirira omwaka nʼomwezi ogwo, nʼolunaku olwo, nʼessaawa eyo, ne basumululwa okutta ekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼabantu. Ne mpulira omuwendo ogwʼeggye eryʼabaserikale nga bali obukadde ebikumi bibiri.
”Ne ndaba malayika omulala owʼamaanyi ngʼakka okuva mu ggulu nga yeetooloddwa ekire, ngʼayambadde musoke ku mutwe gwe; amaaso ge nga gaakaayakana ngʼenjuba ate ebigere bye nga byaka ngʼomuliro. Yali alina mu ngalo ze omuzingo gwʼekitabo omutono ngʼagwanjuluzza, nʼateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja ate ekya kkono nʼakiteeka ku lukalu. Nʼaleekaana mu ddoboozi eryʼomwanguka nga liri ngʼokuwuluguma kwʼempologoma. Ne wabaawo nʼokubwatuka kwa mirundi musanvu olwʼeddoboozi eryo. Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera, nnali nʼatera okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga ligamba nti, “Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.” Awo malayika gwe nalaba ngʼayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu nʼayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu, nʼalayira Oyo omulamu abeerera emirembe gyonna, eyatonda eggulu nʼebintu byonna ebirimu, nʼatonda nʼensi nʼebintu byonna ebigirimu, nʼatonda nʼennyanja ne byonna ebigirimu, ngʼagamba nti, “Tewaliba kulwa nate. Naye mu nnaku ezʼeddoboozi lya malayika owʼomusanvu, bwʼaliba anaatera okufuuwa ekkondeere, ekyama kya Katonda kiribikkulwa, nga bwe yabuulira abaddu be, bannabbi.”
”Eddoboozi lye nawulira nga liva mu ggulu, ne liddamu ne liŋŋamba nti, “Twala omuzingo gwʼekitabo nga mubikkule okuva mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.” Ne ŋŋenda eri malayika ne mugamba ampe omuzingo gwʼekitabo ogwo omutono. Nʼaŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; mu kamwa ko guliwoomerera ngʼomubisi gwʼenjuki, naye guligulumbya olubuto lwo.” Ne nziggya omuzingo ogwo omutono mu mukono gwa malayika ne ngulya, ne gumpomera ngʼomubisi gwʼenjuki, naye bwe nagumira ne gugulumbya olubuto lwange. Ne baŋŋamba nti, “Kikugwanidde okuwa obunnabbi nate ku mawanga, nʼensi, nʼennimi ne bakabaka bangi.”
”Awo malayika owʼomusanvu nʼafuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti, “Obwakabaka bwʼensi eno kati bufuuse bwa Mukama waffe ne Kristo we, era anaafuganga emirembe nʼemirembe.” Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza nga bagamba nti, “Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna, ggwe aliwo kati era eyaliwo, kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo, Era ofuga.”
”Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika abʼomu kibinja kye ne balwanyisa ogusota nʼeggye lya bamalayika baagwo. Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu.
”Ne bayimba oluyimba olwali ngʼoluyimba oluggya olulungi ennyo mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka eya Katonda ne mu maaso gʼebiramu ebina nʼabakadde. Ne wataba muntu nʼomu eyasobola okuyiga oluyimba olwo okuggyako abo emitwalo ekkumi nʼena mu enkumi ennya, abaanunulibwa okuva mu nsi.
”Awo ne ndaba malayika omulala ngʼabuukira mu bbanga ngʼalina Enjiri eyʼemirembe nʼemirembe eyʼokubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi nʼabantu. Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja, nʼensulo zʼamazzi zonna.” Ate malayika omulala owookubiri nʼamugoberera ngʼagamba nti, “Babulooni kigudde! Kigudde, ekibuga ekikulu, kubanga kyasendasenda amawanga gonna okunywa ku mwenge gwʼobusungu obwʼobwenzi bwakyo.” Ne malayika omulala owookusatu nʼabagoberera ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo nʼekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo, oyo alinywa ku mwenge gwʼobusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe ekyʼobusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa nʼomuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga.
”Awo malayika omulala nʼava mu Yeekaalu, nʼamugamba mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Tandika okukozesa ekiwabyo kyo okukungula, kubanga ekiseera kituuse era nʼebyokukungula ku nsi byengedde.” Bwʼatyo eyali atudde ku kire nʼawuuba ekiwabyo kye era nʼakungula ensi.
”Awo malayika omulala nʼava mu Yeekaalu eyʼomu ggulu era naye ngʼalina ekiwabyo ekyogi. Malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba eyalina ekiwabyo ekyogi nti, “Kozesa ekiwabyo kyo osale ebirimba byʼemizabbibu egyʼoku nsi, kubanga gyengedde.” Bwʼatyo malayika nʼawuuba ekiwabyo ekyogi ku nsi, nʼakuŋŋaanyiza ebibala ebyo mu ssogolero lyʼobusungu bwa Katonda. Emizabbibu egyo ne gisogolerwa ebweru wʼekibuga era omugga gwʼomusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo ne buba ngʼokutuuka ku kyuma kyʼomu kamwa kʼembalaasi, ate obuwanvu bwagwo ne guweza nga kilomita ebikumi bisatu (300).
”Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akʼamaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire.
”Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu. Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe nʼemirembe. Awo Yeekaalu nʼejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda nʼemu maanyi ge, so tewaali muntu nʼomu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.
”Awo ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka okuva mu Yeekaalu nga ligamba bamalayika omusanvu nti, “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu ebirimu ekiruyi kya Katonda.” Malayika eyasooka nʼava mu Yeekaalu nʼayiwa ekibya kye ku nsi. Awo amabwa amazibu ne gajja ne gakwata buli muntu eyalina akabonero kʼekisolo na buli eyasinzanga ekifaananyi kyakyo. Malayika owookubiri nʼayiwa ekibya kye ku nnyanja, amazzi ne gafuuka ngʼomusaayi gwʼomuntu amaze ekiseera ekitono ngʼafudde. Ebiramu byonna ebyali mu nnyanja ne bifa. Malayika owookusatu nʼayiwa ekibya kye ku migga ne ku nsulo zʼamazzi, byonna ne bifuuka ngʼomusaayi. Ne mpulira malayika eyakola ku mazzi ngʼayogera nti, “Oli mutuukirivu, Ayi ggwe Omutukuvu, aliwo era eyaliwo, kubanga bwʼotyo bwe wasala omusango. Olwʼokubanga baayiwa omusaayi gwʼabatukuvu ne bannabbi, ogwo gwe musaayi gwʼobawadde okunywa.” Awo ne mpulira ekyoto ngʼakyogera nti, “Weewaawo Mukama Katonda Ayinzabyonna, ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.” Awo malayika owookuna nʼayiwa ekibya kye ku njuba, nʼevaamu omuliro ne gwokya abantu. Abantu ne bookebwa omuliro ogwagivaamu ne bavvoola erinnya lya Katonda Omuyinza wʼebibonyoobonyo ebyo, ne bateenenya okukyuka okuliwa ekitiibwa. Awo malayika owookutaano nʼayiwa ekibya kye ku ntebe eyʼobufuzi bwʼekisolo, obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza. Nʼabo be kifuga nabo obulumi ne bubalumya obujiji, ne bavvoola Katonda owʼeggulu olwʼobulumi bwe baalimu, nʼamabwa agaali gabaluma, naye ne bateenenya bikolwa byabwe ebibi. Awo malayika owʼomukaaga nʼayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati ne gukalira, bakabaka abʼebuvanjuba basobole okuyisaawo amaggye gaabwe.
”Awo malayika owʼomusanvu nʼayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi eryʼomwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe yʼobwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.”
”Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu nʼajja nʼayogera nange, nʼaŋŋamba nti, “Jjangu nkulage ebigenda okutuuka ku mukazi malaaya omukulu atudde ku mazzi amangi. Bakabaka abʼoku nsi bayenda naye nʼabantu abʼoku nsi banywa omwenge ogwʼobwenzi bwe ne batamiira.” Bwʼatyo malayika nʼantwala mu mwoyo, mu ddungu, ne ndaba omukazi ngʼatudde ku kisolo ekimyufu ekyalina emitwe omusanvu nʼamayembe ekkumi, okwali kuwandiikiddwa amannya agavvoola Katonda.
”Oluvannyuma lwʼebyo ne ndaba malayika omulala ngʼakka okuva mu ggulu nʼobuyinza obungi ennyo era ensi nʼeyakaayakana olwʼekitiibwa kye yalina.
”Awo malayika omu owʼamaanyi nʼasitula ejjinja eddene eriri ngʼolubengo nʼalisuula mu nnyanja nga bwʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Bwe kityo Babulooni, ekibuga ekikulu bwe kirisuulibwa wansi nʼamaanyi, era tekiriddayo kulabika nate emirembe gyonna.
”Awo ebiramu ebina nʼabakadde amakumi abiri mu abana ne basinza Katonda eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, nga bagamba nti, “Amiina. Aleruuya.”
”Awo ne ndaba malayika omu ngʼayimiridde mu njuba ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu,
”Awo ne ndaba malayika ngʼakka okuva mu ggulu ngʼalina ekisumuluzo ekyʼobunnya obutakoma era ngʼalina olujegere oluzito mu mukono gwe. Nʼakwata ogusota guli ogwʼedda, ye Setaani, nʼagusiba mu lujegere gumale emyaka lukumi,
”Awo omu ku bamalayika omusanvu abaali bamaze okuyiwa ebibya ebyalimu ebibonoobono omusanvu ebyʼenkomerero nʼajja nʼaŋŋamba nti, “Jjangu nkulage omugole wʼOmwana gwʼEndiga.” Nʼantwala ku ntikko yʼolusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; nʼandaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda,
”Ate nʼapima ne bbugwe waakyo ne kiweza mita nkaaga mu mukaaga ngʼekipimo kyʼomuntu bwe kiri ngʼapimye, awamu nʼekyʼabamalayika.
”Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga; kyokka ye nʼaŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu nʼabo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”
”“Nze Yesu, owʼomu kikolo era owʼomu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka eyʼEnkya.”
”