02 – Katonda
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Katonda.
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Katonda.
“Nze Alufa ne Omega,” bwʼayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”
”“Katonda oyo ye yakola ensi nʼebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama wʼeggulu nʼensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa nʼemikono gyʼabantu,
”Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.
”Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu nʼensi.
”Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama nʼamulabikira, nʼamugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.
”Awo Musa nʼabuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?” Katonda nʼagamba Musa nti, “NDI NGA BWE NDI,” nʼayongera nti, “Bwʼotyo bwʼonootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘NDI yʼantumye gye muli.’” Katonda nʼayongera nʼagamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘MUKAMA, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, yʼantumye gye muli.’ Eryo lye linnya lyange eryʼolubeerera, era lye linnya lye nnajjuukirirwangako mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.
”Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era afuuse obulokozi bwange; Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga, ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga. Mukama mulwanyi; MUKAMA, lyʼerinnya lye.
”“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama, gwalina amaanyi nʼekitiibwa; omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama, gwasesebbula omulabe.
”Mukama nʼayita mu maaso ga Musa nʼagamba nti, “Nze Mukama, Mukama Katonda alina ekisa nʼokusaasira okungi, atasunguwala mangu, ajjudde obwesigwa nʼokwagala okutaggwaawo. Akuuma okwagala eri enkumi nʼenkumi asonyiwa ebisobyo byabwe, nʼobujeemu bwabwe, nʼebibi byabwe. Talema kubonereza oyo asingiddwa omusango. Abonereza abaana nʼabazzukulu olwʼebisobyo bya bakadde baabwe nʼebya bajjajjaabwe, okutuukira ddala ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna.”
”Tosinzanga katonda mulala yenna, kubanga Nze Mukama, ayitibwa Waabuggya, ndi Katonda wa buggya.
”Naye nno mu mazima ddala nga bwe ndi omulamu, era ngʼekitiibwa kya Mukama Katonda bwe kijjuza ensi yonna,
”Katonda si muntu, nti ayinza okulimba, oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye. Ayogera nʼatakola? Asuubiza nʼatatuukiriza?
”Kubanga Mukama Katonda wo muliro ogwokya ne gusaanyaawo, ye Katonda owʼobuggya.”
”“Walagibwa ebintu ebyo byonna olyoke otegeere nga Mukama ye Katonda; era nga awatali ye tewali mulala. Yakuleka nʼowulira eddoboozi lye nga liva mu ggulu alyoke akuyigirize. Yakulaga omuliro gwe omungi ennyo ku nsi, nʼowulira ebigambo bye nga biva mu muliro ogwo.
”“Wulira, Ayi Isirayiri: Mukama Katonda waffe ali omu.
”Noolwekyo osaananga okukitegeeranga nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa akuuma endagaano ye eyʼokwagala okutaggwaawo eri abamwagala era abagondera ebiragiro bye okutuuka ku mirembe olukumi. Naye abo abamukyawa alibeesasuza nʼokuzikirizibwa; tagenda kulwawo kwesasuza oyo amukyawa.
”Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wʼabakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi.
”Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu, nʼebikolwa bye byonna bya bwenkanya. Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa, Omwenkanya era omutereevu mu byonna.
”Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo, era akuwanirira nʼemikono gye emirembe gyonna. Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba, nʼagamba nti, ‘Bazikirize!’
”Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda tewali mulala wabula ggwe; tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.
”“Naye ddala Katonda anaabeeranga ku nsi? Laba, eggulu nʼeggulu lyʼeggulu terikumala, ne yeekaalu eno toyinza kugigyamu.
”Naye Mukama nʼabakwatirwa ekisa nʼabasaasira, era nʼassaayo omwoyo gye bali olwʼendagaano gye yakola ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nti talibazikiririza ddala. Nʼokutuusa ku lunaku olwa leero tayagalanga kubazikiriza okuva mu maaso ge.
”“Weebaze Mukama kubanga mulungi; era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
”“Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga nʼomutima gumu nʼemmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okwʼebirowoozo. Bwʼonoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bwʼonoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna.
”Obukulu, nʼamaanyi, nʼekitiibwa, nʼobuwanguzi, nʼokugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda, kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda, era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna. Obugagga nʼekitiibwa biva gyʼoli, era ggwe ofuga ebintu byonna; omukono gwo gwʼamaanyi era gwa buyinza era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.
”nʼayogera nti, “Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda owʼomu ggulu? Si ggwe ofuga obwakabaka bwonna mu nsi? Obuyinza nʼamaanyi biri mu mukono gwo, nʼokubaawo ne watabaawo nʼomu ayinza okuyimirira mu maaso go.
”Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri oli mutuukirivu, era otuleseewo ffe ekitundu kino leero. Laba tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango, newaakubadde nga tewali eyandisobodde okuyimirira mu maaso go.”
”Ggwe wekka, ggwe Mukama, era ggwe wakola eggulu, nʼeggulu erya waggulu, nʼeggye lyalyo lyonna, nʼensi nʼebigirimu byonna, nʼennyanja nʼebigirimu byonna. Buli kintu gwʼokiwa obulamu, era nʼeggye eryʼomu ggulu likusinza.”
”“Osobola okupima ebyama bya Katonda? Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna nʼomumalayo?
”“Mmanyi ngʼoyinza okukola ebintu byonna, era tewali kyotegeka kyonna kiyinza kuziyizibwa.
”Naye Katonda oyo atuula mu ggulu, abasekerera busekerezi, nʼenkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
”Katonda mulamuzi wa mazima; era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Aboogera bwe batyo boonoonefu, bakola ebitasaana tekuli nʼomu ku bo akola kirungi. Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi ngʼasinziira mu ggulu, okulaba obanga mulimu mu bo ategeera, era abanoonya Katonda. Naye bonna bakyamye boonoonese; teri akola kirungi, era teri nʼomu.
”Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa, ggwe alokola nʼomukono gwo ogwa ddyo abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda, ebbanga ne litegeeza emirimu gyʼemikono gye.
”Zabbuli ya Dawudi Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
”Eddoboozi lya Mukama lyʼamaanyi; eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
”Mukama asinziira mu ggulu nʼalaba abaana bʼabantu bonna; asinziira mu kifo kye mwʼabeera nʼalaba abantu bonna abali ku nsi.
”Ababi basalira abatuukirivu enkwe, ne babalumira obujiji. Naye Mukama asekerera ababi, kubanga amanyi ngʼentuuko zaabwe ziri kumpi.
”Kubanga Katonda ye Kabaka wʼensi yonna, mumutendereze ne Zabbuli eyʼettendo. Katonda afuga amawanga gonna; afuga amawanga ngʼatudde ku ntebe ye entukuvu.
”Tongoba wʼoli, era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
”Onnyanukule, Ayi Mukama olwʼobulungi bwʼokwagala kwo; onkyukire olwʼokusaasira kwo okungi.
”Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe nʼemirembe! Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye. Amiina era Amiina!
”Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama; nʼabo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
”Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama; era teriiyo akola bikolwa ngʼebibyo. Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda ganajjanga mu maaso go ne gakusinza; era ne bagulumiza erinnya lyo eryʼekitiibwa. Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa; ggwe wekka ggwe Katonda.
”Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era owʼekisa, olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala nʼobwesigwa.
”Obutuukirivu nʼobwenkanya gwe musingi gwʼobwakabaka bwo. Okwagala nʼobwesigwa bye binaakukulemberanga.
”Ensozi nga tezinnabaawo, nʼensi yonna nga tonnagitonda; okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero yʼemirembe gyonna, ggwe Katonda.
”Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi; ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
”Mukama afuga, amawanga gakankane; atuula wakati wa bakerubi, ensi ekankane.
”Mugulumizenga Mukama Katonda waffe, mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu, kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.
”Kubanga Mukama mulungi, nʼokwagala kwe kwa lubeerera; nʼobwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.
”Ku ntandikwa wassaawo omusingi gwʼensi; nʼeggulu gyʼemirimu gyʼemikono gyo. Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera. Byonna birikaddiwa ngʼebyambalo. Olibikyusa ngʼebyambalo, ne bisuulibwa. Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera nʼemyaka gyo tegirikoma.
”Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira, tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
”Ngʼeggulu bwe litumbidde ennyo waggulu wʼensi, nʼokwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya. Ebibi byaffe abituggyako nʼabitwala wala ngʼebuvanjuba bwʼeri ewala okuva ebugwanjuba.
”Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo emirembe gyonna, nʼobulokozi bwe eri abaana bʼabaana baabwe. Be bo abakuuma endagaano ye ne bajjukira okugondera amateeka ge. Mukama anywezezza entebe ye eyʼobwakabaka mu ggulu, nʼobwakabaka bwe bufuga ensi yonna.
”Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo; ojjudde obukulu nʼekitiibwa. Yeebika ekitangaala ngʼayeebikka ekyambalo nʼabamba eggulu ngʼeweema,
”Mwebaze Mukama, kubanga mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyosnna.
”Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna, era nʼekitiibwa kye kisinga eggulu.
”Katonda waffe ali mu ggulu; akola buli kyʼayagala.
”Mukama kyonna kyʼasiima kyʼakola, mu ggulu ne ku nsi; mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
”Mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
”Mwebaze Mukama wʼabafuzi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
”Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
”Kale mwebaze Katonda wʼeggulu, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
”Nnaagenda wa Omwoyo wo gyʼatali? Oba nnaagenda wa ggwe gyʼotoli? Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gyʼoli; bwe nnakka emagombe, nayo nga gyʼoli.
”Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo, nʼobukulu bwe tebwogerekeka.
”Nnaatendanga obukulu nʼobulungi bwʼekitiibwa kyo, era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
”Mukama wa kisa, ajudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
”Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna era ayagala byonna bye yatonda. Mukama abeera kumpi nʼabo bonna abamukoowoola; abo bonna abamukoowoola mu mazima.
”eyakola eggulu nʼensi nʼennyanja ne byonna ebirimu, era omwesigwa emirembe gyonna. Atereeza ensonga zʼabajoogebwa mu bwenkanya, nʼabalumwa enjala abawa ebyokulya. Mukama asumulula abasibe.
”Mukama ategeka omuwendo gwʼemmunyeenye; era buli emu nʼagituuma erinnya. Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi gʼobuyinza bwe tegatendeka, nʼokutegeera kwe tekuliiko kkomo.
”Njagala abo abanjagala, nʼabo abanyiikira okunnoonya bandaba.
”Amaaso ga Mukama galaba buli wantu, alaba abatuukirivu nʼabakozi bʼebibi.
”Ani eyali alinnye mu ggulu nʼakka? Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu kyʼengalo ze? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyatonda enkomerero zonna ezʼensi? Erinnya lye yʼani, ne mutabani we yʼani? Mbulira obanga obimanyi.
”Mugende mwekweke mu njazi, mwekweke mu binnya wansi mu ttaka, nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda, nga mudduka entiisa yʼekitiibwa kyʼobukulu bwe.
”Buli omu yali ngʼayogera ne munne nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
”Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda owʼEggye, nze Mutukuvu, nze gwe muba mutya, era gwe muba mwekengera.
”Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, nʼokufuga kunaabanga ku bibegabega bye. Nʼerinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi wʼamagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe owʼEmirembe Gyonna, Omulangira wʼEmirembe.
”Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye, Mwoyo owʼamagezi nʼokutegeera ne Mwoyo wʼokusala ensonga, nʼowʼamaanyi ne Mwoyo wʼokumanya era nʼokutya Mukama Katonda.
”Songa Mukama ayagala nnyo okuba owʼekisa gyʼoli; era agolokoka okukulaga okusaasira. Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya, balina omukisa bonna abamulindirira.
”Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama yʼatuwa amateeka, Mukama ye Kabaka waffe, yʼalitulokola.
”Amawanga gonna agʼomu nsi gabalibwa mu maaso ge, gyʼali gabalibwa nga si kintu nʼakamu. Kale ani gwe mulifaananya Katonda? Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
”Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu, era gyʼali abantu bali ngʼamayanzi. Atimba eggulu ngʼolutimbe era alibamba ngʼeweema eyʼokubeeramu.
”Tonnamanya? Tonnawulira? Mukama, ye Katonda ataliggwaawo. Omutonzi wʼenkomerero yʼensi. Tazirika so takoowa era nʼamagezi ge tewali nʼomu ayinza kugapima.
”“Nze Mukama, eryo lye linnya lyange, nʼekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.
”“Muli bajulirwa bange,” bwʼayogera Mukama, “omuweereza wange gwe nalonda: mulyoke mummanye, munzikirize, mutegeere nga Nze wuuyo: Tewali Katonda eyansooka era teriba mulala alinzirira. Nze, Nze mwene, nze Mukama; okuggyako nze tewali Mulokozi.
”Bwʼati bwʼayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we, Mukama Katonda owʼEggye: “Nze wʼolubereberye era nze nkomererayo era tewali Katonda mulala we ndi.
”Bwʼati bwʼayogera Mukama Omulokozi wo, eyakutondera mu lubuto. “Nze Mukama, eyatonda ebintu byonna, eyabamba eggulu nzekka, eyayanjuluza ensi obwomu,
”balyoke bamanye nga okuva enjuba gyʼeva okutuuka gyegenda tewali mulala wabula nze. Nze Mukama, tewali mulala. Nze nteekawo ekitangaala nʼentonda ekizikiza. Nze ndeeta okukulaakulana nʼokubonaabona. Nze Mukama akola ebyo byonna.”
”Kubanga bwʼatyo bwʼayogera Mukama eyatonda eggulu, ye Katonda eyabumba ensi nʼagikola. Ye yassaawo emisingi gyayo. Teyagitonda kubeera nkalu naye yagikola etuulwemu. Ye yagamba nti, Nze Mukama so tewali mulala.
”Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe. Muteese muyambagane. Ani eyayogera nti kino kiribaawo? Ani eyakyogerako edda? Si nze Mukama? Tewali Katonda mulala wabula nze, Katonda omutuukirivu era Omulokozi, tewali mulala wabula nze.” “Mudde gye ndi, mulokoke, mmwe mwenna abali ku nkomerero zʼensi, kubanga nze Katonda so tewali mulala.
”Mujjukire ebigambo ebyasooka ebyʼedda ennyo. Kubanga nze Katonda, teri mulala. Nze Katonda, teri ali nga nze; alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo. Okuva ku mirembe egyʼedda ennyo, nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
”Kubanga Omutonzi wo ye balo, Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye. Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo, Katonda owʼensi yonna, bwʼayitibwa.
”“Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe era nʼamakubo gammwe si ge makubo gange,” bwʼayogera Mukama. “Ngʼeggulu bwe liri waggulu okukira nʼensi, bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo nʼamakubo gammwe, nʼebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.
”Kubanga bwʼatyo bwʼayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe nʼemirembe, owʼerinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu nʼoyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gwʼabakkakkamu, era nʼogwʼabo ababoneredde.
”Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda, “Eggulu yʼentebe yange kwe nfugira nʼensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange, nnyumba ki gye mulinzimbira? Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?
”Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu, era Kabaka owʼemirembe gyonna. Bwʼasunguwala, ensi ekankana, amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.
”Mukama yakola ensi nʼamaanyi ge, nʼatonda ebitonde byonna nʼamagezi ge, era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.
”Noolwekyo ndibayigiriza, ku mulundi guno; ŋŋenda kubalaga amaanyi gange nʼobuyinza bwange. Olwo balyoke bamanye nti erinnya lyange nze Mukama.
”“Omuntu ayinza okwekweka mu bifo ebyʼekyama ne sisobola kumulaba?” bwʼayogera Mukama. “Sijjuza eggulu nʼensi?” bwʼayogera Mukama.
”Mukama yatulabikira edda ngʼagamba nti, “Nkwagadde nʼokwagala okutaliggwaawo, kyenvudde nkusembeza gye ndi nʼekisa ekijjudde okwagala.
”Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we, oba omusajja muganda we ngʼagamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga bonna balimmanya, okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,” bwʼayogera Mukama. “Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, nʼekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”
”‘Ayi Mukama Katonda, ggwe wakola eggulu nʼensi nʼamaanyi go amangi ennyo, nʼomukono gwo ogugoloddwa. Tewali kintu na kimu kikulema. Olaga okwagala kwo eri enkumi nʼenkumi ate oleeta ekibonerezo kyʼebibi bya bakitaabwe ku baana baabwe. Ayi Katonda owʼekitalo era owʼamaanyi, ayitibwa Mukama Katonda owʼEggye,
”“Nze Mukama, Katonda wʼabantu bonna. Eriyo ekinnema?
”Nʼayogera nti, “Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe nʼemirembe, kubanga amagezi nʼobuyinza bibye. Ategeera ebiseera nʼebiro; assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka; awa amagezi abagezigezi, era nʼokumanyisa abo abategeevu. Abikkula ebyama ebyakisibwa edda; amanyi ebifa mu nzikiza, nʼekitangaala kibeera naye.
”Era ndikwogereza ennaku zonna, ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima, ne mu kwagala ne mu kusaasira.
”Mukama Katonda owʼEggye, Mukama lyʼerinnya lye erijjukirwa.
”Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi era ye yatonda nʼembuyaga era abikkulira omuntu ebirowoozo bye. Yafuula enkya okubeera ekiro, era alinnya mu bifo ebigulumivu ebyʼensi. Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye.
”Katonda wa buggya era Mukama awalana eggwanga. Mukama awalana eggwanga era ajudde ekiruyi. Mukama yeesasuza ku balabe be era aterekera abamuwakanya obusungu bwe. Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi era tayinza nʼakatono butabonereza oyo gwe gusinze. Ekkubo lye liri mu mpewo eyʼakazimu ne mu kibuyaga, nʼebire ye nfuufu yʼebigere bye.
”Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ngʼamazzi bwe ganjaala ku nnyanja.
”Mukama Katonda ali naawe, owʼamaanyi alokola: alikusanyukira, alikukkakkanyiza mu kwagala kwe, alikusanyukira nʼokuyimba.”
”Naye mbagamba nti: Temulayiranga nʼakatono! Temulayiranga ggulu, kubanga ye ntebe yʼobwakabaka bwa Katonda. Temulayiranga nsi, kubanga yʼentebe yʼebigere bye. Temulayiranga Yerusaalemi, kubanga kyʼekibuga kya Kabaka omukulu.
”Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bwʼali Omutuukirivu.”
”Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti, Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya Lyo litukuzibwe.
”Totuganya kukemebwa naye tulokole eri omubi.
”Yesu nʼasaba bwʼati nti, “Ayi Kitange, Mukama wʼeggulu nʼensi, nkwebaza kubanga ebigambo byo bino ebyʼamazima wabikisa abo abeeyita abʼamagezi ennyo, naye nʼobibikkulira abaana abato.
”Yesu nʼabatunuulira, nʼabaddamu nti, “Mu buntu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna.”
”‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”
”“Omwana wʼOmuntu bwʼalijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe eyʼekitiibwa kye. Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ngʼomusumba bwʼayawulamu endiga nʼembuzi.
”Awo Yesu nʼasemberera abayigirizwa be nʼabategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu.
”Yesu nʼabatunuulira enkaliriza nʼabagamba nti, “Eri abantu tekisoboka nʼakatono. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”
”Yesu nʼamuddamu nti, “Eryʼolubereberye lye lino nti ‘Wulira, Isirayiri! Mukama Katonda waffe, Mukama ali omu yekka.
”Yesu nʼaddamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana wʼOmuntu ngʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ngʼakomawo mu bire ebyʼeggulu.”
”Awo Yesu, ngʼajjudde Mwoyo Mutukuvu, nʼavaayo ku mugga Yoludaani, Omwoyo nʼamutwala mu ddungu,
”Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bwʼali owʼekisa.”
”Mu kiseera ekyo Yesu nʼajjula essanyu ku bwa Mwoyo Mutukuvu nʼagamba nti, “Nkutendereza Kitange, Mukama wʼeggulu nʼensi, kubanga wakweka ebintu bino abagezi nʼabayivu, naye nʼobibikkulira abaana abato. Weewaawo Kitange, bwʼotyo bwe wasiima.
”Nʼabagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti, ‘Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe, obwakabaka bwo bujje.
”Kigambo yaliwo ngʼensi tennatondebwa. Kigambo yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda. Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda. Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo.
”“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.
”Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe.
”Kubanga Katonda Mwoyo nʼabo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.”
”Yesu nʼabaddamu nti, “Nze mmere eyʼobulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta.
”Nze mmere eyʼobulamu.
”Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bwʼalya ku mmere eno aliba mulamu emirembe nʼemirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”
”Awo Yesu nʼayongera okwogera nʼekibiina, nʼagamba nti, “Nze Musana gwʼensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga nʼomusana ogwʼobulamu.”
”Kale Nze nneyogerako era nʼoyo eyantuma ategeeza ebyange.”
”Yesu nʼabagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi, naye Nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, Nze siri wa ku nsi kuno.
”Yesu nʼabaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.”
”“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olwʼendiga.
”Yesu nʼamugamba nti, “Nze kuzuukira nʼobulamu; akkiriza nze newaakubadde ngʼafudde, aliba mulamu,
”Yesu nʼaddamu nti, “Nze kkubo, nʼamazima nʼobulamu. Tewali nʼomu ajja eri Kitange wabula ngʼayita mu Nze. Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”
”Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gwʼalituma mu linnya lyange, bwʼalijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.
”Tewali kwagala kusinga okwʼomuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.
”Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi.
”Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gwʼomanyi emitima gyʼabantu bonna, tulage gwʼolonze ku bantu bano ababiri,
”“Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bwʼagamba nti, ‘Eggulu yʼentebe yange eyʼobwakabaka. Nʼensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange. Mukama nʼagamba nti, Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki? Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
”“Katonda oyo ye yakola ensi nʼebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama wʼeggulu nʼensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa nʼemikono gyʼabantu,
”Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna nʼabakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo. Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu. Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kwʼensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo nʼobwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu byʼobutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.
”Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo nʼatufiirira.
”Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya nʼokwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
”Kale nga Katonda wa kitalo, ngʼamagezi ge mangi nʼokutegeera kwe kungi era nʼobugagga bungi; ensala ye eyʼemisango nga tekeberekeka, nʼamakubo ge tegekkaanyizika. “Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama? Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?” “Oba ani eyali asoose okumuwa ekintu, alyoke amuddizeewo?” Kubanga byonna biva gyʼali, era biyita mu ye era bidda gyʼali. Ekitiibwa kibe gyʼali emirembe gyonna. Amiina.
”okukkiriza kwammwe kuleme kuba kwʼamagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.
”Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kwogera bwogezi, wabula mu maanyi.
”Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.
”amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, nʼamutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu. Waggulu eyo, Kristo gyʼafugira obufuzi bwonna, nʼobuyinza bwonna, nʼamaanyi gonna, nʼobwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. Katonda atadde ebintu byonna wansi wʼebigere bye, nʼafuula Kristo omutwe gwʼebintu byonna ebyʼekkanisa, era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.
”Kyokka olwʼokwagala kwe okungi, nʼekisa kye ekingi,
”Ku bwʼoyo Kristo ffenna tuyita mu Mwoyo omu okutuuka eri Kitaffe.
”Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.
”Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa.
”Katonda kyeyava amugulumiza, nʼamuwa erinnya erisinga amannya gonna; buli vviivi eryʼabo abali mu ggulu nʼabali ku nsi, era nʼabali wansi wʼensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
”Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika nʼebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba abʼobuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa. Ye gwe mutwe gwʼomubiri, nʼomubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna. Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye,
”Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okwʼObwakabaka mwe kulabikira mu mubiri, era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gwʼobufuzi bwonna nʼobuyinza bwonna.
”Kabaka owʼolubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe nʼemirembe. Amiina.
”ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali nʼomu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, nʼobuyinza obutaggwaawo, Amiina.
”Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ezʼenjawulo ngʼayita mu bannabbi; naye mu nnaku zino ezʼoluvannyuma yayogera naffe ngʼayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi nʼebintu byonna ebirimu. Amasamasa nʼekitiibwa kya Katonda, era kyʼekifaananyi kye ddala bwʼali, era abeezaawo buli kintu olwʼekigambo kyʼamaanyi ge. Bwe yamala okukola ekikolwa ekyʼokututukuza okuva mu bibi, nʼatuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obwʼomu ggulu.
”Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo eyʼObwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe nʼemirembe; obutuukirivu, gwe muggo ogwʼobwakabaka bwo.
”Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.
”Kubanga ddala, “Katonda waffe, gwe muliro ogwokya.”
”Yesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bwʼali era bwʼaliba emirembe nʼemirembe.
”Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda ebyʼomu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala.
”Okukkiriza obukkiriza nti Waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza nʼokukankana ne bakankana!
”eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼafuga bamalayika nʼaboobuyinza, nʼabaamaanyi abʼomu ggulu.
”Kubanga Katonda Kitaffe yamuwa ekitiibwa nʼettendo, eddoboozi bwe lyawulikika okuva mu ggulu mu kitiibwa ekingi ekimasamasa nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
”Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gyʼali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza nʼakatono.
”Naye buli atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala.
”Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kwʼalina gye tuli. Katonda kwagala, era buli abeera nʼokwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.
”Waliwo okukakasa kwa mirundi esatu: Mwoyo Mutukuvu, nʼamazzi, nʼOmusaayi, era ebisatu ebyo bikkiriziganya.
”Era tumanyi ngʼOmwana wa Katonda yajja mu nsi, nʼatuwa okutegeera tumanye Katonda owʼamazima, era tuli mu oyo Katonda owʼamazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda owʼamazima nʼobulamu obutaggwaawo.
”Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olwʼamaanyi ge nʼobuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.
”“Nze Alufa ne Omega,” bwʼayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”
”“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Saadi wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda nʼemmunyeenye omusanvu nti, Mmanyi ebikolwa byo, ngʼolina erinnya eriraga nti oli mulamu so nga oli mufu.
”Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe eyʼobwakabaka ngʼetegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko. Eyali agituddeko yali ayakaayakana ngʼamayinja agʼomuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ngʼentebe eyo yeetooloddwa musoke ngʼayakaayakana nga zumaliidi. Entebe eyʼobwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe. Mu ntebe eyo eyʼobwakabaka ne muvaamu okumyansa nʼamaloboozi nʼokubwatuka. Mu maaso gʼentebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gyʼemyoyo omusanvu egya Katonda. Ne mu maaso gʼentebe eyo waaliwo ekiri ngʼennyanja eyʼendabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi nʼemabega waabyo nga biri wakati wʼentebe eyʼobwakabaka nʼokugyetooloola. Ekisooka ku biramu bino kyali ngʼempologoma, ekyokubiri nga kifaanana ngʼennyana, nʼekyokusatu kyalina amaaso ngʼagʼomuntu, nʼekyokuna kyali ngʼempungu, ebuuka. Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana nʼekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti, “Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna, Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.” Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa nʼettendo nʼokwebaza, Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso gʼOyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, omulamu emirembe nʼemirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso gʼentebe eyo, nga bwe bagamba nti, “Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa nʼettendo nʼobuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”
”Ne ndaba nga ali ngʼOmwana gwʼEndiga ngʼattiddwa ngʼayimiridde wakati wʼentebe eyʼobwakabaka nʼebiramu ebina, ne wakati wʼabakadde, ngʼalina amayembe musanvu nʼamaaso musanvu, gyʼemyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu ekyʼensi.
”Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi wʼensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, nʼettendo, nʼekitiibwa, nʼamaanyi byʼOyo atudde ku ntebe yʼobwakabaka awamu nʼOmwana gwʼEndiga, emirembe nʼemirembe.”
”Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja, nʼensulo zʼamazzi zonna.”
”Ate ne mpulira oluyoogaano lwʼabantu abangi olwawulikika ngʼamayengo agʼennyanja ennene, oba ngʼeddoboozi eryʼokubwatuka, ne boogera nti, “Aleruuya, kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna yʼafuga.
”Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti: “KABAKA WA BAKABAKA ERA MUKAMA WA BAKAMA.”
”Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu nʼOmwana gwʼEndiga, bo ye yeekaalu yaakyo. Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gwʼEndiga ye ttaala yaakyo.
”Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.
”