03 – Abantu
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Abantu.
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Abantu.
Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze; ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange. Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri eyʼentiisa era eyʼekitalo; emirimu gyo gya kyewuunyo; era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
”Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
”Ensi yali nnyonoonefu mu maaso ga Katonda era ngʼejjudde eddalu. Katonda nʼalaba ensi, era laba, ngʼeyonoonese mu kweyisa kwayo kubanga buli muntu yenna yali kyetwala nga tewakyali mutuukirivu.
”Awo Katonda nʼagamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja ebyʼomu nnyanja, nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga, nʼensolo zonna, nʼensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.” Bwʼatyo Katonda nʼatonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera; nʼabatonda omusajja nʼomukazi. Katonda nʼabawa omukisa, nʼabagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.” Awo Katonda nʼagamba nti, “Laba mbawadde buli kimera ekyʼensigo ekiri ku nsi na buli muti ogwʼensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga. Mbawadde na buli nsolo eyʼoku nsi, na buli kinyonyi ekyʼomu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.
”Mukama Katonda nʼakola omuntu okuva mu nfuufu eyʼoku nsi nʼamufuuwa mu nnyindo omukka ogwʼobulamu. Omuntu nʼaba omulamu.
”Mukama Katonda nʼayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.”
”Omusajja nʼagamba nti, “Lino lye ggumba eryʼomu magumba gange, ye nnyama eyʼomu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.” Noolwekyo omusajja kyʼanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu. Omusajja nʼomukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.
”Mu ntuuyo zo mwʼonoggyanga ekyokulya, okutuusa lwʼolidda mu ttaka mwe wava, kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mwʼolidda.”
”Luno lwe lulyo lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda. Yabatonda omusajja nʼomukazi, nʼabawa omukisa nʼabatuuma, “abantu.”
”Awo Katonda nʼagamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; nʼennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.”
”Katonda nʼalaba ngʼekibi kyʼomuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza yʼomutima gwʼomuntu mbi njereere ebbanga lyonna. Mukama nʼanakuwala nnyo kubanga yatonda omuntu ku nsi, nʼalumwa nnyo mu mutima gwe.
”Ensi yali nnyonoonefu mu maaso ga Katonda era ngʼejjudde eddalu. Katonda nʼalaba ensi, era laba, ngʼeyonoonese mu kweyisa kwayo kubanga buli muntu yenna yali kyetwala nga tewakyali mutuukirivu.
”Mukama nʼawulira akawoowo akalungi akamusanyusa, nʼayogera mu mutima gwe nti, “Si kyaddayo kukolimira nsi olwʼomuntu, newaakubadde ngʼendowooza yʼomutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Si kyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze.
”Kubanga obulamu bwʼekitonde buli mu musaayi, ate nkibawadde okubatangiririra ku kyoto; omusaayi gwe gutangiririra obulamu bwʼomuntu.
”Mukama Katonda yʼaleeta okufa, era yʼawa obulamu; atwala emagombe ate nʼazuukiza.
”Naye Mukama nʼagamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.”
”nʼagamba nti, “Nazaalibwa sirina kantu era bwe ntyo bwe ndiddayo. Mukama ye yawa era Mukama yʼaggyeewo, erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.”
”Obanga abaddu be tabeesiga, nga bamalayika be abalanga ensobi kale kiriba kitya, abo abasula mu zʼebbumba ezirina emisingi egiri mu nfuufu, ababetentebwa nʼokusinga ekiwojjolo?
”Kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi, era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ngʼekisiikirize.
”“Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola. Ate kaakano onookyuka okunsanyaawo? Jjukira nti wammumba ngʼebbumba, ate kaakano onoonfuula ngʼenfuufu? Tewanzitulula ngʼamata nʼonkwasa ngʼomuzigo?” Tewannyambaza omubiri nʼolususu, nʼoluka amagumba nʼebinywa nʼongatta? Kale wampa okuganja mu maaso go, era walabirira, nʼomwoyo gwange.
”Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe, na buli mukka ogussibwa abantu bonna.
”Omuntu azaalibwa omukazi, abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana. Amulisa ngʼekimuli nʼawotoka; abulawo mangu ngʼekisiikirize, tabeerera.
”Ennaku zʼomuntu zaagererwa, wagera obungi bwʼemyezi gye era nʼoteekawo ekkomo lyʼatasobola kusukka.
”oba oleeta otya omuntu obuntu, omugwagwa era omuvundu, anywa obutali butuukirivu nga amazzi!
”Emyaka mitono eginaayitawo nga sinnakwata lugendo olwʼobutadda.”
”Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu, omwana wʼomuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”
”gye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze, omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange, emimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu, era olulimi lwange terujja kwogera bulimba.
”Omwoyo wa Katonda ye yankola, era omukka gwʼoyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.
”Omuntu kye ki ggwe okumujjukira, omuntu obuntu ggwe okumufaako?
”Kubanga wamukola nʼabulako katono okuba nga Katonda; nʼomussaako engule eyʼobukulu nʼekitiibwa. Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola nʼemikono gyo: byonna wabissa wansi wʼebigere bye, ebisibo nʼamagana agʼebisolo byonna ebyʼomu nsiko, nʼennyonyi ezʼomu bbanga, nʼebyennyanja ebyʼomu nnyanja; era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Aboogera bwe batyo boonoonefu, bakola ebitasaana tekuli nʼomu ku bo akola kirungi. Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi ngʼasinziira mu ggulu, okulaba obanga mulimu mu bo ategeera, era abanoonya Katonda. Naye bonna bakyamye boonoonese; teri akola kirungi, era teri nʼomu.
”Zabbuli ya Dawudi Ensi ya Mukama nʼebigirimu byonna, nʼensi zonna nʼabo abazibeeramu. Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja, nʼagizimba ku mazzi amangi.
”Mukama asinziira mu ggulu nʼalaba abaana bʼabantu bonna; asinziira mu kifo kye mwʼabeera nʼalaba abantu bonna abali ku nsi. Ye yʼategeka ebirowoozo byabwe bonna ne yeetegereza byonna bye bakola.
”“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba, nʼennaku ze nsigazza; ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.” Ennaku zʼobulamu bwange wazitegeka ziri ngʼoluta. Obungi bwʼemyaka gyange tobulabamu kantu. Buli muntu, mukka bukka.
”Onenya omuntu ngʼomukangavvula olwʼekibi kye kyʼakola, omumaliramu ddala ensa, ngʼennyenje bwʼekola olugoye. Ddala omuntu mukka bukka.
”Ddala, nazaalibwa mu kibi; kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
”Ssaddaaka Katonda gyʼayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo. Omutima ogumenyese era oguboneredde, Ayi Katonda, toogugayenga.
”Ya Mukulu wa Bayimbi; Zabbuli ya Dawudi Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Boonoonefu, nʼempisa zaabwe mbi nnyo; tewali nʼomu akola kirungi. Katonda atunuulira abaana bʼabantu ngʼasinziira mu ggulu, alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera era abamunoonya. Bonna bamukubye amabega ne boonooneka; tewali akola kirungi, tewali nʼomu.
”Yajjukira nga baali mubiri bubiri; ngʼempewo egenda nʼetedda!
”Jjukira ekiseera kyʼobulamu bwange nga bwe kiri ekimpi. Wateganira bwereere okutonda abantu bonna! Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa nʼawangula amaanyi gʼemagombe?
”Obungi bwʼennaku zaffe gyʼemyaka nsanvu, oba kinaana bwe tubaamu amaanyi. Naye emyaka egyo gijjula ennaku nʼokutegana, era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
”Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe, tulyoke tubeere nʼomutima ogwʼamagezi.
”Ennaku zange ziri ngʼekisiikirize kyʼolweggulo nga buziba; mpotoka ngʼomuddo. Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo eyʼobwakabaka emirembe nʼemirembe; erinnya lyo linajjukirwanga abʼomu mirembe gyonna.
”Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa era ngʼajjukira nti tuli nfuufu. Wabula omuntu, ennaku zʼobulamu bwe ziri ngʼomuddo; akula nʼagimuka ngʼekimuli ekyʼomu nnimiro; Empewo ekifuuwa, ne kifa; nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
”Bwʼokweka amaaso go ne byeraliikirira nnyo; bwʼobiggyamu omukka nga bifa, nga biddayo mu nfuufu.
”Eggulu eryʼoku ntikko lya Mukama, naye ensi yagiwa abantu bonna. Abafu tebatendereza Mukama, wadde abo abaserengeta emagombe.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, okebedde omutima gwange, nʼotegeera byonna ebiri munda yange. Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya; era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo. Otegeera okutambula kwange kwonna nʼokuwummula kwange. Omanyi amakubo gange gonna. Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama, okimanya nga sinnaba na kukyogera.
”Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze; ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange. Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri eyʼentiisa era eyʼekitalo; emirimu gyo gya kyewuunyo; era ekyo nkimanyidde ddala bulungi. Wammanya nga ntondebwa, bwe nakolerwa mu kyama; bwe natondebwa mu buziba bwʼensi nʼamagezi go amangi. Wandaba nga si natondebwa. Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera zawandiikibwa mu kitabo kyo. Byʼondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda! Omuwendo gwabyo munene! Singa ngezaako okubibala bisinga omusenyu obungi. Ne bwe ngolokoka mu makya oba okyandowoozaako.
”Omuntu ali nga mukka. Ennaku ze ziri ngʼekisiikirize ekiyita obuyisi.
”Teweesiganga bafuzi, wadde abantu obuntu omutali buyambi. Kubanga bafa ne bakka emagombe; ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
”Mukama akyawa abantu abalina emitima emikyamu, naye abʼamakubo amagolokofu be bamusanyusa.
”Omutima gwa kabaka guli ngʼamazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama, era agukyusiza gyʼayagala yonna. Buli kkubo lya muntu liba ngʼettuufu mu maaso ge, naye Mukama apima omutima.
”Abagagga nʼabaavu balina kimu ekibagatta, Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.
”Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina nʼajja mu nsi nga talina kintu, bwʼatyo bwʼaliddayo nga mwereere ngʼava mu nsi. Tewali kyʼaggya mu mirimu gye, wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.
”Obwatiikirivu bwʼerinnya eddungi businga ebyʼakawoowo ebirungi; nʼolunaku olwʼokufa lusinga olwo olwʼokuzaalirwako.
”Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu, atakola bibi.
”Tewali muntu alina buyinza kufuga mpewo; bwe kityo tewali nʼomu alina buyinza ku lunaku lwa kufa kwe. Ngʼomuntu bwʼaweebwa ebiragiro mu biseera ebyʼolutalo, bwe kityo nʼobutali butuukirivu bwe buduumira abo ababutambuliramu.
”Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi wʼenjuba. Ate emitima gyʼabantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; nʼoluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe.
”Nga bwʼotosobola kutegeera kkubo mpewo, oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto; bwʼotyo bwʼotosobola kutegeera Katonda Omutonzi wa byonna byʼakola.
”Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti, “Yogera mu ddoboozi eryʼomwanguka.” Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti, “Abantu bonna bali nga muddo, nʼobulungi bwabwe bumala ennaku ntono ngʼebimuli ebyʼomu nnimiro. Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako. Mazima abantu muddo.
”Bwʼatyo bwʼayogera Mukama Katonda, eyatonda eggulu nʼalibamba. Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu; awa omukka abantu baakwo era nʼobulamu eri bonna abagitambulirako.
”Bwʼati bwʼayogera Mukama Omulokozi wo, eyakutondera mu lubuto. “Nze Mukama, eyatonda ebintu byonna, eyabamba eggulu nzekka, eyayanjuluza ensi obwomu,
”“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi. Mmwe baani abatya omuntu alifa, nʼomwana wʼomuntu ali ngʼomuddo,
”Ffenna twawaba ngʼendiga; buli omu ku ffe nʼakwata ekkubo lye; Mukama nʼamuteekako obutali butuukirivu bwaffe ffenna.
”“Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe era nʼamakubo gammwe si ge makubo gange,” bwʼayogera Mukama. “Ngʼeggulu bwe liri waggulu okukira nʼensi, bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo nʼamakubo gammwe, nʼebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.
”Ffenna twafuuka batali balongoofu era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde ekko. Ffenna tuwotookerera ne tukala ngʼekikoola, era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo. Tewali nʼomu akoowoola linnya lyo oba eyewaliriza okukukwatako, kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go, era nʼotuwaayo ne tuzikirira olwʼebibi byaffe. Ate ngʼera, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi, ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
”“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo; nga tonnava mu lubuto nʼakutukuza. Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”
”Era mweyisizza bubi nʼokusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ngʼakakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo kyʼokuŋŋondera.
”Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge, era alina omutima oguva ku Katonda.
”Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etawonyezeka. Ani ayinza okugutegeera? Nze Mukama nkebera omutima, ngezesa emmeeme, okuwa buli muntu ngʼamakubo ge bwe gali, ngʼebikolwa bye bwe biri.
”Buli kiramu, kyange; obulamu bwʼomuzadde nʼobwʼomwana bwonna nabwo bwange.
”Ndibawa omutima omuggya era ne nteeka nʼomwoyo omuggya mu mmwe. Ndibaggyamu omutima ogwʼejjinja ne mbawa omutima ogwʼennyama.
”Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda eri amagumba gano nti, Laba ndibateekamu omukka ne mufuuka abalamu. Ndibateekako ebinywa nʼennyama ne mbabikkako nʼolususu; ndibateekamu omukka, ne mufuuka abalamu. Olwo mulimanya nga nze Mukama.’ ”
”Awo bwe yatunuulira ekibiina kyʼabantu nga bajja gyʼali, nga bakooye nnyo, era nga basaasaanye ngʼendiga ezitalina musumba, nʼabasaasira nnyo.
”Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.
”Omusajja omulungi ayogera ebirungi ebiva mu tterekero lye eddungi, era nʼomuntu omubi ayogera ebibi ebiva mu tterekero lye ebbi.
”Naye ebintu ebiva mu kamwa, biva mu mutima ne byonoona omuntu. Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, nʼobwenzi, nʼobukaba, nʼobubbi, nʼokuwaayiriza, nʼokuvvoola.
”Naye Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ngʼabo be bannannyini bwakabaka obwʼomu ggulu.”
”Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”
”Kubanga mu mutima gwʼomuntu mwe muva ebirowoozo ebibi ebyʼobukaba, nʼobubbi, nʼobutemu, nʼobwenzi, nʼokwegomba, nʼomutima omubi, nʼobukuusa, nʼobumenyi bwʼamateeka, nʼobuggya, nʼokusekeeterera, nʼobusirusiru. Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona.”
”Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja nʼomukazi. Omusajja kyʼanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, nʼagenda nʼagattibwa ne mukazi we. Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta, omuntu takyawukanyanga.”
”Yesu nʼamuddamu nti, “Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi nʼomu wabula Katonda yekka.
”Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, nʼomuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa kʼomuntu koogera ku biba bijjudde mu mutima gwe.”
”Era amanyi enviiri eziri ku mutwe gwo nga bwe zenkana obungi. Temutya kubanga mmwe muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.
”Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kwʼomubiri, wadde okwagala kwʼomuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda.
”Kyokka Yesu teyabeesiga, kubanga amanyi abantu bonna, kubanga yamanya bwʼafaanana, nga teyeetaaga kubuulirwa muntu kyali.
”Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bwʼatazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” Nikodemo nʼamuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bwʼaba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, nʼazaalibwa?” Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ngʼomuntu azaaliddwa amazzi nʼOmwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, nʼekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. Noolwekyo teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri.
”“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.
”Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi.
”Yesu nʼabagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi, naye Nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, Nze siri wa ku nsi kuno. Kyenvudde mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti Nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”
”era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini yʼawa buli muntu obulamu nʼomukka gwʼassa nʼebintu byonna. Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ngʼabaggya mu muntu omu, nʼabasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. Nʼateekateeka amawanga agalisituka nʼagaligwa, era nʼebbanga lye galimala. Era nʼagakolera nʼensalo zaago. Yakola bwʼatyo ngʼayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala. Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ngʼomu ku bawandiisi bammwe bwʼagamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’”
”Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna nʼabakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo.
”Beeyita abʼamagezi ne bafuuka abasirusiru, ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi kyʼomuntu aggwaawo, nʼekyʼebinyonyi, nʼekyʼebirina amagulu ana nʼekyʼebyewalula. Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira ebyʼobugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka.
”Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Olyoke otuukirire mu bigambo byo, era osinge bwʼosala omusango.”
”Ngʼebyawandiikibwa bwe bigamba nti: “Tewali mutuukirivu nʼomu. Tewali ategeera wadde anoonya Katonda. Bonna baakyama, bonna awamu baafuuka kitagasa; tewali nʼomu akola obulungi, tewali nʼomu.”
”Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda.
”Ekibi kyajja mu nsi olwʼomuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri yʼemu olwʼokuba nga bonna baayonoona, bonna balifa.
”Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olwʼekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya. Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi ekyʼokufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. Tumanyi kino nti omuntu waffe owʼedda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gwʼekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. Omuntu bwʼafa aba takyafugibwa kibi. Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda. Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo. Temuwangayo bitundu byammwe ebyʼomubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ngʼabantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe ebyʼomubiri gwammwe bikozesebwe ebyʼobutuukirivu eri Katonda.
”Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe ebyʼomubiri okuba abaddu bʼebirowoozo ebyʼobugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe ebyʼomubiri okuba abaddu bʼobutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu.
”Kubanga bwe twali tukyafugibwa omubiri, okwegomba kwʼebibi kwakoleranga mu bitundu byaffe ebyʼomubiri olwʼamateeka, era enkomerero kwali kufa.
”Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi nʼakamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola.
”Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa?
”Amateeka ga Musa kye gataayinza kukola, olwʼokunafuyizibwa omubiri, Katonda yakikola mu Mwana we yennyini bwe yamutuma mu kifaananyi kyʼomubiri ogwʼekibi, nʼasalira ekibi omusango mu mubiri. Ekyo kyabaawo, ebyʼobutuukirivu mu mateeka biryoke bituukirire mu ffe bwe tugondera Omwoyo, ffe abatatambulira mu mubiri naye abatambulira mu Mwoyo. Abo abalowooleza mu mubiri balowooza bintu bya mubiri, naye abalowooleza mu Mwoyo balowooza bya Mwoyo. Okulowooleza mu byʼomubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu nʼemirembe. Kubanga okulowooza ebyʼomubiri kya bulabe eri Katonda. Ebirowoozo ebyʼomubiri tebiyinza kuwulira mateeka ga Katonda. Nʼabo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda. Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bwʼataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo.
”Kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa. Naye bwe munnatta ebikolwa ebyʼomubiri, muliba balamu,
”Kino kitegeeza nti Abaana abʼomubiri si be baana ba Katonda, wabula abo abʼokusuubiza be babalibwa okuba ezzadde lya Ibulayimu.
”naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ngʼokwegomba kwagwo bwe kuli.
”Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gyʼali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo.
”Temumanyi nti Mmwe muli Yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.
”Oba temumanyi ngʼomubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era nʼemibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.
”Kuba ngʼokufa bwe kwaleetebwa omuntu, era nʼokuzuukira kwʼabafu kwaleetebwa muntu. Kuba ngʼabantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo.
”Kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo omubiri ogwʼabantu, waliwo ogwʼensolo, waliwo ogwʼennyonyi, era waliwo nʼogwʼebyennyanja.
”Era bwe kiri mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, ne guzuukizibwa nga si gwa kuvunda. Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo. Kale obanga waliwo omubiri obubiri, era waliwo omubiri ogwʼomwoyo, kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ngʼalina obulamu.” Kyokka Adamu owʼoluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu. Naye ekyʼomwoyo si kye kyasooka, wabula ekyʼomubiri obubiri kye kyasooka, nʼoluvannyuma ekyʼomwoyo ne kijja. Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu. Ngʼeyakolebwa mu nfuufu bwʼali, nʼabo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. Era nga bwe tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tulifaanana oyo eyava mu ggulu. Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti Omubiri guno ogwʼoku nsi, ogwʼennyama nʼomusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera.
”Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ngʼemibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe owʼomunda adda buggya bulijjo.
”Kubanga tumanyi ngʼennyumba yaffe eyʼensiisira eyʼoku nsi bwʼerisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, eyʼolubeerera eyʼomu ggulu. Kubanga tusindira mu nnyumba eno, nga twegomba okwambazibwa ennyumba yaffe eriva mu ggulu. Kubanga bwe tulyambazibwa, tetulisangibwa nga tuli bwereere. Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa, nga tetwagala kusangibwa nga tetwambadde, wabula nga twambadde, omubiri ogufa gumiribwe obulamu.
”Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ngʼebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri nʼomwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.
”Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
”Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. Kubanga okwegomba kwʼomubiri kulwanagana nʼOmwoyo, nʼOmwoyo nʼalwanagana nʼomubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala.
”Nʼabo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri nʼokwegomba kwagwo, nʼomululu gwagwo.
”Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.
”Edda naffe twatambuliranga mu kwegomba kwʼemibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri nʼebirowoozo. Era okufaanana ngʼabantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ngʼabalala bonna.
”Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu byʼobulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu.
”Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde.
”Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ngʼOmwoyo bwʼatuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.
”Ekyo newaakubadde nkibabuulidde emirundi emingi, nkiddamu nga nkaaba nʼamaziga, nti Waliwo abalabe bʼomusaalaba gwa Kristo, era ekibalindiridde kwe kuzikirira, kubanga okulya kubafuukidde katonda waabwe, ebyo ebyandibakwasizza ensonyi kye kitiibwa kyabwe era balowooza bintu bya mu nsi. Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. Kale bwʼalijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ngʼogugwe ogwʼekitiibwa, ngʼakozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.
”Mwekuumenga walemenga kubaawo nʼomu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu byʼobulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obwʼabantu nʼebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo.
”Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa nʼataakomolebwa, Omunnaggwanga, nʼOmusukusi, omuddu nʼowʼeddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.
”Katonda owʼemirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, nʼemmeeme yammwe nʼomubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olwʼokujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
”Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu.
”Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, nʼokwagala era nʼokwegendereza.
”Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, nga ba nkwe, nga baagala ebyʼamasanyu okusinga bwe baagala Katonda; nga balina ekifaananyi ekyʼokutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu abʼengeri eyo obeewalanga.
”Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu, naye eri abo abatali balongoofu nʼabatakkiriza, tewaba kirongoofu na kimu. Kubanga amagezi gaabwe nʼebirowoozo byabwe byayonooneka. Bagamba nti Bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu, tebasaanira kuweebwa mulimu mulungi nʼakatono.
”Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti, “Omuntu kye ki ggwe okumujjukira? Oba Omwana wʼOmuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo? Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono, wamutikkira engule eyʼekitiibwa nʼettendo, nʼoteeka ebintu byonna wansi wʼebigere bye.” Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we.
”Olwʼokubanga abaana balina omubiri nʼomusaayi, naye yalina omubiri nʼomusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi agʼokufa, ye Setaani. Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olwʼentiisa yʼokufa.
”Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala ekyʼobwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme nʼomwoyo, nʼennyingo nʼobusomyo, era kyawula ebirowoozo nʼokufumiitiriza kwʼomutima. Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.
”Ngʼabantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu nʼoluvannyuma okulamulwa ne kutuuka,
”Naye buli muntu akemebwa ngʼokwegomba kwe okubi, bwe kuli, nʼasendebwasendebwa. Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, nʼekibi bwe kikula ne kizaala okufa. Noolwekyo, abooluganda abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga.
”Ngʼomubiri bwe guba omufu omwoyo bwe gutagubeeramu, nʼokukkiriza bwe kutyo kuba kufu bwe kuteeyolekera mu bikolwa.
”Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.” Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ngʼolufu olulabika ate mangwago ne lubula.
”Kubanga, “Abantu bonna bali ngʼomuddo, nʼekitiibwa kyabwe kiri ngʼekimuli kyʼomuddo. Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa.
”Abaagalwa, mutegeerere ddala nti Ku nsi kuno muli bayise. Kyenva mbeegayirira mwewale okwegomba kwʼomubiri, kubanga kulwanagana nʼomwoyo.
”Temwagalanga nsi, wadde ebyʼensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe. Kubanga buli ekyʼensi: okwegomba kwʼomubiri, nʼokwegomba kwʼamaaso, nʼokwekuluntaza okwʼobulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi. Ensi nʼokwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda byʼayagala abeerera emirembe gyonna.
”Mulabe okwagala Katonda kwʼatwagala bwe kuli okunene ennyo, nʼatuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.
”nʼabalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi zʼomuliro, nʼabalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ngʼaboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe.
”Laba, ajja nʼebire, na buli liiso lirimulaba, nʼabaamufumita balimulaba, era nʼamawanga gonna ku nsi galimukungubagira. Weewaawo. Amiina!
”