06 – Geyeena

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Geyeena.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, nʼokufa nʼAmagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu nʼasalirwa omusango, ngʼebikolwa bye bwe byali. Okufa nʼAmagombe ne bisuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro, kuno kwe kufa okwokubiri. Era buli eyasangibwa ngʼerinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo ekyʼobulamu, nʼasuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro.

Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olwʼekibi. Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogwʼekibonerezo ekyʼomuliro ogwʼamaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda.

Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero yʼensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu nʼababi. Ababi balibasuula mu nkoomi yʼomuliro eriba okukaaba nʼokuluma obujiji.”

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 123 ebitundu

Naye Mukama nʼagamba Musa nti, “Oyo yekka ankozeeko ekibi gwe ndisangula mu kitabo kyange. Kaakano genda otwale abantu mu kifo ekyo kye nakutegeeza; era, laba, malayika wange ajja kukukulembera. Naye ekiseera nga kituuse okubabonereza ndibabonerereza ddala olwʼekibi kyabwe.”

Mukama taamusonyiwenga, kubanga obusungu bwa Mukama nʼekiruyi kye binaabuubuukiranga ku muntu oyo. Ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino binaamukkangako, era Mukama alisangula erinnya lye nʼaliggya wansi wʼeggulu.

Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro, ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe, gusenkenya ensi nʼebibala byayo, ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago.

Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda, bwʼatyo nʼaziikwa mu ntaana talivaayo.

nti omusajja omukozi wʼebibi awona ku lunaku olwʼemitawaana, era awona ku lunaku olwʼekiruyi?

Ababi balisuulibwa emagombe; ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.

Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe, wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda.

Ebisiba ebyʼamagombe byanneetooloola; nʼemitego gyʼokufa ne ginjolekera.

Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna; omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa. Bwʼolirabika, Ayi Mukama, olibasiriiza nʼomuliro ngʼogwʼomu kyoto ekyengeredde. Mukama, ngʼajjudde obusungu, alibamira bonna, era alibamalirawo ddala.

Okufa kubatuukirire, bakke emagombe nga bakyali balamu; kubanga bajjudde okukola ebibi.

Bawanduukululwe mu kitabo kyʼobulamu; baleme kulabika ku lukalala lwʼabatuukirivu.

Abo abakyawa Mukama ne beegonza gyʼali; ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.

Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi; wawonya omwoyo gwange amagombe.

Omuntu atalina magezi tamanyi; nʼomusirusiru kino tasobola kukitegeera; Newaakubadde ngʼabakola ebibi baloka ngʼomuddo, nʼaboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi, boolekedde okuzikirira okwʼemirembe nʼemirembe!

Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize ekyʼokufa; abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi; Kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda, ne banyoomoola amagezi gʼoyo Ali Waggulu Ennyo.

Mukama akuuma bonna abamwagala, naye abakola ebibi alibazikiriza.

Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira, era nti abagenyi be bali mu buziba obwʼemagombe.

Okufa nʼokuzikirira biri mu maaso ga Mukama, nʼokulaba alaba nnyo emitima gyʼabaana bʼabantu!

Ekkubo eryʼobulamu liyimusa omugezi, ne limuziyiza okukka emagombe.

Tolekangayo kukangavvula mwana, bwʼomubonereza nʼakaggo tekimutta. Mubonerezenga nʼakaggo, kiwonye emmeeme ye okufa.

Amagombe ne ggeyeena tebikkuta, nʼamaaso gʼabantu nago bwe gatyo tegakkuta.

Kale byonna biwuliddwa; eno yʼenkomerero yaabyo: Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge, kubanga ekyo omuntu kyʼagwanira okukola. Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa; ekyo ekyakwekebwa, nga kirungi oba nga kibi.

Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro, nʼOmutukuvu waabwe abeere olulimi lwʼomuliro, mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala amaggwa ge nʼemyeramannyo gye. Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa kyʼebibira bye, nʼennimiro ze, engimu, ngʼomusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.

Era nʼessanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda. Taasalenga misango ngʼasinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba, oba okusalawo ngʼasinziira ku byawulira nʼamatu ge byokka, Naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya, era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu abʼomu nsi; era alikuba ensi nʼomuggo ogwʼomu kamwa ke, era alitta omukozi wʼebibi nʼomukka ogwʼomu kamwa ke.

Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi, lulijja ngʼokuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba! Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi, na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka; era bakeŋŋentererwe nʼokubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ngʼomukazi alumwa okuzaala. Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira. Laba olunaku lwa Mukama lujja, olunaku olubi ennyo olwʼekiruyi nʼobusungu obubuubuuka okufuula ensi amatongo, nʼokuzikiriza abakozi bʼebibi okubamalamu. Kubanga emmunyeenye ezʼomu ggulu nʼebibiina byazo tebiryaka; enjuba nayo teryaka nga bwʼekola bulijjo, nʼomwezi nagwo tegulyaka. Ndibonereza ensi olwʼokwonoona kwʼayo, nʼabakozi bʼebibi olwʼebyonoono byabwe. Era ndimalawo okweyisa kwʼabʼamalala era nzikakkanya okwenyumiriza kwʼabo abakambwe.

Noolwekyo ndikankanya eggulu, era nʼensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo, olwʼobusungu bwa Mukama Katonda owʼEggye, ku lunaku lwʼobusungu bwe obungi.

Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ngʼojja, gagolokosa emyoyo gyʼabafu ku lulwo, bonna abaali abakulembeze bʼensi; gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe, bonna abaali bakabaka baamawanga. Abo bonna balyogera ne bakugamba nti, “Naawe oweddemu amaanyi nga ffe! Naawe ofuuse nga ffe!” Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe, awamu nʼamaloboozi gʼennanga zo; bakwalidde envunyu, nʼensiriŋŋanyi zikubisseeko.

Ngʼogudde okuva mu ggulu, ggwe emunyeenye eyʼenkya, omwana wʼemambya! Ngʼotemeddwa nʼogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga! Wayogera mu mutima gwo nti, “Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emunyeenye za Katonda; era nditeeka entebe yange waggulu ntuule ku lusozi olwʼokukuŋŋaanirako ku njuyi ezʼenkomerero ezʼobukiikakkono; ndyambuka okusinga ebire we bikoma, ndyoke nfuuke ngʼoyo ali waggulu ennyo.” Naye ossibbwa wansi emagombe, ku ntobo yʼobunnya.

Baafa, tebakyali balamu; egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka. Wababonereza nʼobazikiriza, wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira.

Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gyʼabeera okubonereza abantu bʼensi olwʼebibi byabwe. Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako, era teriddayo nate kukweka abattibwa.

Talizikizibwa emisana nʼekiro, nʼomukka gwe gulinyooka ennaku zonna. Edomu alisigala kifulukwa emirembe nʼemirembe, era tewaliba nʼomu ayita mu nsi eyo.

Kubanga tewali nʼomu mu nsi yʼabafu ayinza kukutendereza, abafu tebayinza kukusuuta; tebaba na ssuubi mu bwesigwa bwo.

“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro, era nʼamagaali ge agʼembalaasi galiba ngʼempewo eyʼomuyaga. Alijja nʼobusungu bwe nʼekiruyi era alibanenya nʼennimi ezʼomuliro. Omuliro nʼekitala Mukama Katonda byʼalibonerezesa abantu bonna, nʼabo abalisaanyizibwawo baliba bangi.

“Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gyʼabasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so nʼomuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”

Buli kiramu, kyange; obulamu bwʼomuzadde nʼobwʼomwana bwonna nabwo bwange.

“Awo ne neyongera okwetegereza ebigambo ebyʼokwegulumiza, ejjembe lye byayogeranga. Ne ntunula okutuusa ensolo enkambwe bwe yafumitibwa nʼettibwa, nʼesuulibwa mu muliro, nʼezikirizibwa.

Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo nʼamateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu nʼekitundu. “ ‘Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, nʼobuyinza bwe ne bumuggyibwako, ne buzikiririzibwa ddala.

Bangi ku beebase mu nfuufu eyʼensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, nʼabalala eri ensonyi nʼokuswazibwa okutaggwaawo.

“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ngʼekikoomi, nʼabʼamalala bonna nʼabo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bwʼayogera Mukama owʼEggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi.

Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi nʼAbasaddukaayo nga bajja okubatizibwa nʼabagamba nti, “Mmwe, abaana bʼessalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?

Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala, gutemebwa gusuulibwe mu muliro, gugye.”

Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”

“Mwawulira abʼedda bwe baagambibwa nti, ‘Tottanga, na buli anattanga, anaawozesebwa.’ Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lwʼabakulembeze bʼAbayudaaya nʼawozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena.

Noolwekyo obanga eriiso Lyo erya ddyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule wala. Kubanga kirungi okugenda mu ggulu ngʼebitundu byo ebimu tobirina okusinga okugenda nabyo byonna mu ggeyeena. Era obanga omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ebibi, kirungi okugutemako ogusuule wala. Okugenda mu ggulu ngʼekitundu kyʼomubiri gwo ekimu tokirina kisinga okugenda mu ggeyeena nʼebitundu byʼomubiri gwo byonna.

“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene nʼomulyango mugazi, nʼabalonda ekkubo eryo bangi. Kubanga omulyango mufunda, nʼekkubo eridda eri obulamu ffunda, era nʼabaliraba batono.”

Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro. Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”

“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obwʼomu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala. Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga ebyʼobunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola nʼebyamagero bingi mu linnya lyo.’ Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”

Naye abaana bʼobwakabaka, baligoberwa ebweru mu kizikiza ekikutte, eriba okukaaba nʼokuluma obujiji.”

Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo nʼomubiri mu ggeyeena.

Omusajja omulungi ayogera ebirungi ebiva mu tterekero lye eddungi, era nʼomuntu omubi ayogera ebibi ebiva mu tterekero lye ebbi. Era mbategeeza nti Buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olwʼokusalirako emisango. Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango.”

Ennimiro yʼensi, nʼensigo ennungi be baana bʼobwakabaka, naye omuddo be baana ba Setaani. Omulabe eyasiga ensigo ezʼomuddo ye Setaani, amakungula yʼenkomerero yʼensi nʼabakunguzi be bamalayika. “Noolwekyo ngʼomuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero yʼensi. Omwana wʼOmuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, nʼabajeemu, babasuule mu nkoomi yʼomuliro. Omwo mwe muliba okukaaba nʼokuluma obujiji.

Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero yʼensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu nʼababi. Ababi balibasuula mu nkoomi yʼomuliro eriba okukaaba nʼokuluma obujiji.”

Era nkutegeeza nti, Ggwe Peetero, olwazi, era ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekkanisa yange, nʼamaanyi gonna aga Setaani tegaligiwangula.

Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye nʼafiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olwʼobulamu bwe? Kubanga Omwana wʼOmuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ngʼebikolwa bye bwe byali.

Nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ngʼabaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obwʼomu ggulu.

Naye alyesitazza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”

Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ngʼogongobadde oba ngʼolemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ngʼolina emikono ebiri nʼebigere bibiri. Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ngʼolina eriiso limu okusinga okugenda mu muliro gwa ggeyeena ngʼolina amaaso go gombi.”

“Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, nʼalaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. Kabaka nʼamubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina kyʼaddamu. “Awo kabaka nʼalagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono nʼamagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba nʼokuluma obujiji.’

“Mmwe emisota! Abaana bʼembalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena?

alimutemamu ebitundu bibiri, ebitundu bye nʼabiteeka awamu nʼabannanfuusi, eriba okukaaba nʼokuluma obujiji.”

“Naye baali baakagenda anaawasa omugole nʼatuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo. Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, ‘Ssebo, tuggulirewo!’ Naye nʼabaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!’

Nʼomuddu oyo ataliiko kyʼagasa mumusuule ebweru mu kizikiza eri okukaaba nʼokuluma obujiji.’

“Omwana wʼOmuntu bwʼalijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe eyʼekitiibwa kye. Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ngʼomusumba bwʼayawulamu endiga nʼembuzi. Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo nʼembuzi ku gwa kkono.

“Bwʼatyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa, nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’ “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala oba ngʼoli muyonta, oba ngʼoli mugenyi oba ngʼoli bwereere oba mulwadde oba ngʼoli mu kkomera, ne tutakuyamba?’ “Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’ “Abo baligenda ku kibonerezo ekyʼemirembe nʼemirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”

Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe nʼemirembe naye alisingibwa omusango olwʼekibi ekyʼemirembe nʼemirembe.”

Kale omuntu agasibwa ki singa alya ensi yonna, naye nʼafiirwa obulamu bwe? Omuntu ayinza kuweebwa ki, akiwanyise olwʼobulamu bwe?

“Na buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze, kwe kumusiba ejjinja eryʼolubengo olunene, nʼasuulibwa mu nnyanja. Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Okuba nʼomukono ogumu nʼoyingira mu bulamu kisinga okuba nʼemikono ebiri nʼolaga mu ggeyeena, envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira. Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema nʼoyingira mu bulamu kisinga okuba nʼebigere ebibiri nʼolaga mu ggeyeena envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira. Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ngʼoli wa liiso limu okusinga okubeera nʼamaaso go gombi, nʼosuulibwa mu ggeyeena, envunyu gye zitafa nʼomuliro gye gutazikira.

Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga.

nʼolugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye nʼokukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya nʼomuliro ogutazikira.”

Awo Yesu nʼabuuza omusajja nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” Omusajja nʼaddamu nti, “Nze Ligyoni,” kubanga omusajja yaliko baddayimooni bangi. Baddayimooni ne beegayirira Yesu aleme okubagobera mu bunnya obutakoma.

Kubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye nʼafiirwa obulamu bwe?

Ate ggwe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? Nedda, ogenda kuserengesebwa wansi emagombe. “Buli abawuliriza mmwe aba awulirizza Nze, na buli abanyooma aba anyoomye Nze, nʼoyo anyooma Nze aba anyoomye eyantuma.”

Naye nzija kubalaga gwe musaanidde okutya. Mutyenga oyo alina obuyinza okutta ate nʼokusuula mu ggeyeena. Weewaawo mbagamba nti Oyo gwe musaanye okutyanga.

Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe mugenda kuzikirira ngʼabo bwe baazikirira.

Ne wabaawo eyeewuunya nti, “Mukama waffe, abantu abalirokolebwa nga baliba batono?” Yesu nʼaddamu nti, “Mufube okuyingira mu mulyango omufunda kubanga mbagamba nti, bangi balyagala okuyingira naye tebalisobola. Nannyinimu bwʼalisituka nʼaggalawo oluggi, mugenda kubeera bweru nga mukonkona nga bwe mwegayirira nti, ‘Mukama waffe, tuggulirewo.’ Agenda kubaanukula nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo.’ Nammwe muliddamu nti, ‘Twalyanga naawe era twanywanga ffenna, era wayigirizanga mu nguudo zʼewaffe.’ Naye alibaddamu nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo. Munviire mwenna abakozi bʼebitali bya bituukirivu.’ Era walibaawo okukuba ebiwoobe nʼokuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo ne bannabbi bonna nga bali mu bwakabaka bwa Katonda, naye nga mmwe musuulibbwa ebweru.

Awo Yesu nʼabagamba nti, “Waaliwo omusajja omugagga ennyo, eyayambalanga engoye ezʼeffulungu ne linena era bulijjo ngʼabeera mu masanyu era ngʼalya ebyassava. Waaliwo nʼomusajja omwavu erinnya lye nga ye Laazaalo nga mulwadde ngʼajjudde amabwa ku mubiri gwe, eyateekebwanga ku mulyango gwʼomusajja omugagga. Laazaalo ne yeegombanga okulya obukunkumuka obwagwanga wansi nga buva ku mmeeza ya nnaggagga. Nʼembwa zajjanga ne zikomberera amabwa ga Laazaalo. “Ekiseera kyatuuka omusajja omwavu nʼafa, bamalayika ne bamutwala mu kifuba kya Ibulayimu. Oluvannyuma nʼomugagga naye nʼafa, nʼaziikibwa. Naye ngʼali eyo mu magombe mu kubonaabona, nʼatunula waggulu nʼalaba Laazaalo ngʼali mu kifuba kya Ibulayimu. Nʼakoowoola nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!’ “Naye Ibulayimu nʼamuddamu nti, ‘Mwana wange, jjukira nga mu biseera byo ngʼokyali mulamu wafuna ebirungi bye weetaaganga, naye nga Laazaalo ye afuna bibi. Kaakano Laazaalo asanyusibwa naye gwe oli mu kubonaabona. Ate nʼekirala, wakati waffe nammwe waliwo olukonko luwanvu nnyo olutwawula, omuntu ali eno bwʼayagala okujja eyo akoma awo ku mugo gwalwo, nʼoyo ali eyo ayagala okujja eno tasobola.’ “Awo nnaggagga nʼayaziirana nti, ‘Ayi kitange Ibulayimu, nkwegayiridde ntumira Laazaalo oyo mu maka ga kitange, kubanga nninayo abooluganda bataano, abandabulire, bwe balifa baleme kujja mu kifo kino ekirimu okubonaabona okwenkanidde wano.’ Naye Ibulayimu nʼamugamba nti, ‘Balina Musa ne bannabbi, kale bawulire abo.’ “Omugagga nʼaddamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ngʼava mu bafu, bajja kwenenya.’ “Awo Ibulayimu nʼamugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’ ”

“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya lyʼOmwana oyo omu yekka owa Katonda. Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa.

Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”

“Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.

Omuntu bwʼatabeera mu nze asuulibwa ebweru ngʼettabi erikaze. Amatabi ngʼago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya.

Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira so toliwaayo mutukuvu wo.

bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga nʼomubiri gwe tegwavunda.

Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna nʼabakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo. Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu. Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kwʼensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo nʼobwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu byʼobutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza. Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza. Beeyita abʼamagezi ne bafuuka abasirusiru,

Naye olwʼobukakanyavu bwo nʼomutima oguteenenya, weeterekera ekiruyi ku lunaku lwʼekiruyi nʼokubikkulirwa, Katonda lwʼalisalirako omusango ogwʼobutuukirivu. Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye. Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi eryʼokuweebwa ekitiibwa, ettendo nʼobulamu obwʼemirembe nʼemirembe. Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu.

Empeera yʼekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okwʼomubiri wabula ne bagoberera Omwoyo. Kubanga etteeka eryʼOmwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka lyʼekibi nʼokufa.

abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bwʼayogera Mukama.

Kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bwʼayogera Mukama, ‘buli vviivi lirinfukaamirira era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ” Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.

Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso gʼentebe ya Kristo eyʼokusalirako omusango, buli muntu asalirwe olwʼebyo bye yakola ngʼakyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi. Noolwekyo bwe tumanya entiisa ya Katonda, kyetuva tukola obutaweera okuleeta abantu eri Kristo, era kye tuli kimanyiddwa eri Katonda, era nsuubira nga bwe kiri ne mu mitima gyammwe.

kubanga ayonoona, alisasulwa olwʼebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

mu muliro ogwaka, nʼabonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu. Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe nʼemirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, nʼekitiibwa kyʼamaanyi ge.

Ngʼabantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu nʼoluvannyuma okulamulwa ne kutuuka,

Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olwʼekibi. Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogwʼekibonerezo ekyʼomuliro ogwʼamaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda.

Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era nʼomusaayi gwʼendagaano ogunaazaako ebibi nʼaguyisa ngʼogwa bulijjo, era nʼanyoomoola Omwoyo owʼekisa, talibonerezebwa nʼobukambwe obusingawo? Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama yʼaliramula abantu be.” Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!

Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olwʼebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lwʼabatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka nʼabeera mulamu mu mwoyo. Era omwoyo gwe, gwe gwagenda okubuulira Enjiri emyoyo egyali mu kkomera.

Naye waaliwo ne bannabbi abʼobulimba mu bantu, era nga bwe walibaawo abayigiriza abʼobulimba mu mmwe. Baliyingiza mu nkiso enjigiriza enkyamu etwala abantu mu kuzikirira. Balyegaana ne Mukama waffe, ne beereetako okuzikirira okwa mangu. Abantu bangi baligoberera empisa zaabwe ezʼobukaba ne bavumaganyisa ekkubo eryʼamazima; balibafunamu amagoba mangi nga bakozesa ebigambo ebyʼobulimba olwʼomululu gwabwe. Abo Katonda yabasalira dda omusango era nʼokuzikirizibwa kwabwe tekubuusibwabuusibwa.

Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olwʼokusalirwako omusango. Nʼensi eyʼedda teyagisaasira, nʼaleeta amataba ku nsi okuzikiriza abo abataamutya, nʼalokolako Nuuwa eyabuulira obutuukirivu wamu nʼabalala musanvu. Era yasalira omusango abaali mu bibuga byʼe Sodomu nʼe Ggomola bwe yabazikiriza, ne bisirikka mu muliro, bwʼatyo nʼalaga ebyo ebigenda okutuuka ku buli atatya Katonda. Kyokka nʼawonya Lutti, omutuukirivu, eyalumwanga ennyo olwʼobulamu obwʼabantu abo abajeemu. Olwʼokubanga yababeerangamu, buli lunaku, yalabanga era nʼawuliranga ebikolwa ebyʼobujeemu bye baakolanga, ekyo ne kimuleetera okunyolwa mu mwoyo gwe omutuukirivu. Mukama amanyi okuwonya nʼokuggya mu kugezesebwa abamutya, nʼabonereza abatali bakkiriza okutuusa ku lunaku olwʼokusalirako omusango, nʼokusingira ddala abo abagoberera okwegomba kwabwe okwʼomubiri ne banyooma abakulembeze baabwe. Tebaliiko kye batya, beerowoozaako bokka, era tebakwatibwa na nsonyi kuvuma baakitiibwa. Kyokka bo bamalayika newaakubadde be basinga abayigiriza abo amaanyi nʼobuyinza, bwe batwala ensonga ezo eri Mukama waffe tebakozesa lulimi luvuma.

Abantu abo nzizi ezitaliimu mazzi. Bali ngʼebire ebitwalibwa embuyaga, era baterekeddwa ekifo ekyʼekizikiza ekikutte be zigizigi.

Era olwʼekigambo ekyo, eggulu nʼensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olwʼokusalirako omusango, nʼokuzikirizibwa kwʼabo abatatya Katonda.

Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ngʼabamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.

Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye.

Era buno bwe bujulirwa nti: “Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu buno buli mu Mwana we.” Buli alina Omwana alina obulamu, naye oyo atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.

Waliwo abantu abajja mu bubba, abaawandiikwako edda nga baasalirwa omusango, abatatya Katonda abajerega ekisa kya Katonda waffe, ne bakiyisaamu amaaso, ne beegaana Yesu Kristo Mukama waffe, omu yekka.

ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira nʼebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere nʼabassa mu kkomera eryʼekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango. Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola nʼebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi nʼobwenzi, nga nʼabasajja bakolaganako ebyʼensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa nʼomuliro, era byabonerezebwa nʼomuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli.

Abantu bano bwe bajja ne babeegattamu nga muli ku mbaga zammwe ezʼokumanyagana, baba ngʼamabala amabi, nga tebatya, nga beefaako bokka, nga bali ngʼebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; oba ngʼemiti egiwaatudde, egitaliiko bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuulibwa nʼemirandira; oba ngʼamayengo agʼoku nnyanja agasiikuuse, ebikolwa byabwe ne bibaswaza; oba ngʼemmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo ekyʼolubeerera.

nʼabalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi zʼomuliro, nʼabalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ngʼaboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe.

era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo ebyʼokufa nʼamagombe.

Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.”

Awo malayika owookutaano nʼafuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ngʼeva mu ggulu ngʼegwa ku nsi era nʼeweebwa ekisumuluzo ekyʼobunnya obutakoma. Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ngʼoguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olwʼomukka ogwʼomu bunnya.

Ne malayika omulala owookusatu nʼabagoberera ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo nʼekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo, oyo alinywa ku mwenge gwʼobusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe ekyʼobusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa nʼomuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga. Omukka gwʼokubonaabona kwabwe gunyooka emirembe nʼemirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana nʼekiro abo abaasinza ekisolo nʼekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza nʼokuteekebwako akabonero akʼerinnya lyakyo.

Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, kyʼekyʼomunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa.

Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde! Kifuuse empuku ya baddayimooni, nʼekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu, nʼekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu, nʼekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa. Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gwʼobwenzi bwe. Bakabaka abʼomu nsi bonna baayenda naye. Era abasuubuzi abʼomu nsi yonna bagaggawadde olwʼobulamu bwe obwʼokwejalabya.”

Ekitangaala kyʼettaala ngʼeyaka tekirirabikira mu ggwe nate, kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna, era walimbalimba amawanga gonna nʼebyʼobulogo bwo. Era mu Babulooni mwasangibwamu omusaayi gwʼabatukuvu nʼogwa bannabbi, nʼabo bonna abattibwa ku nsi.”

Kubanga ensala ye eyʼemisango ya mazima era ya butuukirivu. Yabonereza malaaya omukulu eyayonoona ensi nʼobwenzi bwe. Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olwʼomusaayi gwʼabaweereza be.” Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Aleruuya! Omukka ogwʼokwokebwa kwe nʼomuliro, gunyooka emirembe nʼemirembe!”

Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ngʼerinnya lye ye Kigambo wa Katonda. Abʼeggye eryʼomu ggulu abaali bambadde engoye eza linena omulungi ennyo enjeru, nabo ne bamugoberera nga beebagadde embalaasi enjeru. Mu kamwa ke mwavaamu ekitala ekyʼobwogi ekyʼokutemesa amawanga. “Alibafuga nʼomuggo ogwʼekyuma.” Alirinnya ku ssogolero lyʼomwenge ogwʼobusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna.

Awo ne ndaba malayika omu ngʼayimiridde mu njuba ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu, mulye ennyama yʼemirambo gya bakabaka, abakulu bʼamaggye nʼabasajja abʼamaanyi, nʼegyʼembalaasi nʼegyʼabo abazeebagala, era nʼegyʼabantu bonna abaddu nʼabʼeddembe, abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa.”

Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi owʼobulimba eyakolanga ebyamagero ngʼekisolo kiraba; bye yakola ngʼalimbalimba abo abakkiriza akabonero kʼekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi owʼobulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja eyʼomuliro eyaka ne salufa. Abaasigalawo ne battibwa nʼobwogi bwʼekitala ekyava mu kamwa kʼoyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ezʼomu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.

Awo ne ndaba malayika ngʼakka okuva mu ggulu ngʼalina ekisumuluzo ekyʼobunnya obutakoma era ngʼalina olujegere oluzito mu mukono gwe. Nʼakwata ogusota guli ogwʼedda, ye Setaani, nʼagusiba mu lujegere gumale emyaka lukumi, nʼagusuula mu bunnya obutakoma era nʼagusibiramu nʼateekako nʼenvumbo guleme kulimbalimba mawanga nate okutuusa ngʼemyaka olukumi giweddeko. Bwe giriggwaako, Setaani ngʼasumululwa okumala akaseera katono.

Awo emyaka olukumi bwe giriggwaako, Setaani aliteebwa okuva mu kkomera lye. Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga agʼomu nsonda ennya ezʼensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye eryʼokulwana eritasoboka na kubalika nga liri ngʼomusenyu ogwʼoku lubalama lwʼennyanja. Ne bambuka basale olusenyi olunene olwʼensi balyoke bazingize abatukuvu okuva ku buli luuyi lwʼekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro ne guva mu ggulu ne gubookya era ne gubamalawo. Awo Setaani eyabalimbalimba nʼasuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro eyaka ne salufa, omuli ekisolo ne nnabbi owʼobulimba era banaabonyaabonyezebwanga emisana nʼekiro emirembe nʼemirembe.

Awo ne ndaba entebe eyʼobwakabaka enjeru nʼOyo eyali agituddeko. Ensi nʼebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. Ne ndaba abafu abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, nʼekitabo ekirala kyʼekitabo ekyʼobulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ngʼebikolwa bye bwe byali. Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, nʼokufa nʼAmagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu nʼasalirwa omusango, ngʼebikolwa bye bwe byali. Okufa nʼAmagombe ne bisuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro, kuno kwe kufa okwokubiri. Era buli eyasangibwa ngʼerinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo ekyʼobulamu, nʼasuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro.

Naye abo ababi nʼabatakkiriza nʼabagwagwa, nʼabassi, nʼabenzi, nʼabalogo nʼabasinza ebifaananyi, nʼabalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja eyʼomuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era nʼomugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, nʼabatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.

Ntegeeza buli omu awulira ebigambo ebyʼobunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo byʼobunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogwʼobulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net