21 – Okusinza

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Okusinza.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana nʼekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti, “Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna, Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.” Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa nʼettendo nʼokwebaza, Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso gʼOyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, omulamu emirembe nʼemirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso gʼentebe eyo, nga bwe bagamba nti, “Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa nʼettendo nʼobuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”

Katonda kyeyava amugulumiza, nʼamuwa erinnya erisinga amannya gonna; buli vviivi eryʼabo abali mu ggulu nʼabali ku nsi, era nʼabali wansi wʼensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Ya Mukulu wʼAbayimbi, Zabbuli ya Batabani ba Koola Eweema zo nga nnungi, Ayi Mukama owʼEggye! Omwoyo gwange guyaayaana, gwagala na kuzirika, olwʼempya za Mukama, omutima gwange nʼomubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu. Weewaawo, ne nkazaluggya yeekoledde ekisu, nʼakataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo awo okumpi nʼEbyoto byo, Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange. Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo, banaakutenderezanga.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 536 ebitundu

Enoka yatambula ne Katonda, nʼataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala.

Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo nʼaleeta omugaati ne wayini. Nʼasabira Ibulaamu omukisa ngʼagamba nti, “Katonda Ali Waggulu Ennyo Omutonzi wʼeggulu nʼensi awe Ibulaamu omukisa. Era Katonda Ali Waggulu Ennyo agulumizibwe agabudde abalabe bo mu mikono gyo.” Awo Ibulaamu nʼamuwa ekitundu ekyʼekkumi ekya buli kimu.

Naye Ibulaamu nʼaddamu kabaka wa Sodomu nti, “Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi wʼeggulu nʼensi,

Awo Ibulaamu nʼavuunama; Mukama nʼamugamba nti,

Awo omusajja nʼakutamya omutwe gwe nʼasinza Mukama.

Awo ne nkutamya omutwe gwange ne nsinza Mukama ne muwa ekitiibwa, Katonda wa mukama wange Ibulayimu eyankulembera nannuŋŋamya mu lugendo lwange okuwasiriza mutabani wa mukama wange omukazi okuva mu bantu ba mukama wange.

Omuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo byabwe nʼavuunama wansi mu maaso ga Mukama.

Malayika wa Mukama nʼamulabikira ngʼasinziira mu muliro ogwaka, mu makkati gʼekisaka. Musa nʼatunuulira ekisaka, nʼalaba nga kyaka naye nga tekisiriira.

Katonda nʼamugamba nti, “Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo wʼoyimiridde kitukuvu.”

Katonda nʼagamba Musa nti, “NDI NGA BWE NDI,” nʼayongera nti, “Bwʼotyo bwʼonootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘NDI yʼantumye gye muli.’”

Naye olwʼensonga eno kyennava nkuleka nʼobeera mulamu, ndyoke njolese amaanyi gange, era nʼerinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi yonna.

Emisana Mukama yabakulemberanga ngʼali mu mpagi eyʼekire okubalaga ekkubo, nʼekiro ngʼali mu mpagi eyʼomuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana nʼekiro. Empagi eyʼekire eyʼemisana, nʼempagi eyʼomuliro eyʼekiro tezaggibwawo mu maaso gʼabantu obudde bwonna.

Awo malayika wa Katonda eyali akulembera abaana ba Isirayiri nʼakyuka nʼabadda emabega; nʼempagi eyʼekire ne yejjulula okuva mu maaso gaabwe, nʼeyimirira emabega waabwe:

Awo Musa nʼabaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti, “Nnaayimbiranga Mukama, kubanga awangudde nʼekitiibwa kingi; Asudde mu nnyanja embalaasi nʼomwebagazi waayo. Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era afuuse obulokozi bwange; Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga, ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga.

“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama, gwalina amaanyi nʼekitiibwa; omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama, gwasesebbula omulabe. Mu bukulu obwʼekitiibwa kyo, wamegga abalabe bo, wabalaga obusungu bwo, ne bubasiriiza ngʼebisasiro.

Ani akufaanana, Ayi Mukama, mu bakatonda bonna? Ani akufaanana, ggwe, Omutukuvu Oweekitiibwa, Atiibwa era atenderezebwa, akola ebyamagero?

Mukama anaafuganga emirembe nʼemirembe.”

Awo olwatuuka, Alooni bwe yali ngʼakyategeeza ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri, ne batunula mu ddungu; era, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu kire.

Mukama nʼagamba Musa nti, “Nzija kujja gyʼoli mu kire ekikutte, abantu bawulire nga njogera naawe, bakukkirizenga era bakwesigenga ennaku zonna.” Musa nʼategeeza Mukama abantu bye baayogera.

Awo ku lunaku olwokusatu ku nkya ne waba okubwatuka nʼokumyansa, nʼekire ekikutte ku lusozi, nʼeddoboozi lyʼakagombe eryʼomwanguka ennyo; abantu bonna abaali mu lusiisira nʼokukankana ne bakankana. Musa nʼaggya abantu mu lusiisira nʼabaleeta basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi wʼolusozi. Olusozi Sinaayi ne lubikkibwa omukka; kubanga Mukama yalukkako mu muliro. Omukka ne gunyooka nga gwambuka ngʼoguva mu kyoto, nʼolusozi lwonna ne lukankana nnyo.

Awo Musa nʼalinnyalinnya olusozi, ekire ne kirubikka. Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi. Ekire ne kibikka olusozi okumala ennaku mukaaga; ku lunaku olwʼomusanvu Mukama nʼayita Musa ngʼasinziira wakati mu kire. Abaana ba Isirayiri bwe baatunuulira ekitiibwa kya Mukama, ne kibalabikira ngʼomuliro ogwʼamaanyi ennyo ku ntikko yʼolusozi. Musa nʼayingira mu kire ngʼagenda alinnyalinnya olusozi. Ku lusozi yamalako ennaku amakumi ana.

Awo waggulu wʼekisaanikira, mu bakerubi bombi abali ku Ssanduuko eyʼEndagaano, we nzija okukusisinkana ndyoke nkuwe ebiragiro byange byonna bye nkoledde abaana ba Isirayiri.

Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi eyʼekire nʼekka nʼeyimirira mu mulyango gwʼEweema; Mukama nʼalyoka ayogera ne Musa. Abantu bwe baalabanga ngʼempagi eyʼekire eyimiridde mu mulyango gwʼEweema, bonna ne basituka ne basinza, buli omu mu mulyango gwʼeweema ye. Bwʼatyo Mukama bwe yayogeranga ne Musa nga batunulaganye, ngʼomuntu bwʼayogera ne mukwano gwe. Musa bwe yaddangayo mu lusiisira, omuweereza we, omuvubuka Yoswa mutabani wa Nuuni, ye nʼasigalayo mu Weema.

Mukama nʼaddamu nti, “Nnaagendanga naawe, era nnaakuwummuzanga.”

Musa nʼagamba nti, “Nkwegayiridde, ndaga ekitiibwa kyo.” Mukama nʼagamba nti, “Nzija kuggyayo obulungi bwange bwonna nga mbuyisa mu maaso go. Era nzija kukutegeeza erinnya lyange, MUKAMA. Buli gwe nnaayagalanga okukwatirwa ekisa, nnaamukwatirwanga ekisa, ne buli gwe nnaayagalanga okusaasira nnaamusaasiranga.” Era nʼagamba nti, “Naye toyinza kulaba maaso gange, kubanga tewali muntu antunulako nʼaba mulamu.” Mukama nʼagamba nti, “Waliwo wano okumpi nange ekifo ku lwazi kwʼonooyimirira. Ekitiibwa kyange bwe kinaaba kiyitawo, nnaakuteeka mu mpataanya mu lwazi, ne nkubikkako omukono gwange okutuusa lwe nnaamala okuyitawo. Oluvannyuma omukono gwange nnaaguggyawo, nʼolaba amabega gange; naye tojja kulaba ku maaso gange.”

Awo Mukama nʼakkira mu kire, nʼayimirira awo ne Musa, nʼalangirira erinnya lye, MUKAMA. Mukama nʼayita mu maaso ga Musa nʼagamba nti, “Nze Mukama, Mukama Katonda alina ekisa nʼokusaasira okungi, atasunguwala mangu, ajjudde obwesigwa nʼokwagala okutaggwaawo. Akuuma okwagala eri enkumi nʼenkumi asonyiwa ebisobyo byabwe, nʼobujeemu bwabwe, nʼebibi byabwe. Talema kubonereza oyo asingiddwa omusango. Abonereza abaana nʼabazzukulu olwʼebisobyo bya bakadde baabwe nʼebya bajjajjaabwe, okutuukira ddala ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna.” Amangwago Musa nʼavuunama wansi, nʼasinza.

Tosinzanga katonda mulala yenna, kubanga Nze Mukama, ayitibwa Waabuggya, ndi Katonda wa buggya.

Awo ekire ne kibuutikira Eweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, yonna nʼejjula ekitiibwa kya Mukama. Musa nʼatasobola kuyingira mu Weema ya Mukama Omukuŋŋaanirwa, kubanga ekire kyagibuutikira, nʼekitiibwa kya Mukama ne kijijjula.

Ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ngʼabaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.

Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira abantu bonna. Omuliro ne gujja nga guva eri Mukama Katonda ne gumalirawo ddala ekiweebwayo ekyokebwa nʼamasavu ebyali ku kyoto. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne baleekaana ne bagalamira wansi ngʼamaaso gaabwe gali ku ttaka.

Mukama nʼagamba Musa nti, “Tegeeza muganda wo Alooni alemenga okujja buli wʼanaayagaliranga, mu kifo Awatukuvu ekiri munda wʼeggigi, okutunuulira entebe eyʼokusaasira eri ku Ssanduuko eyʼEndagaano; bwʼalikikola talirema kufa; kubanga nzijanga kulabikira mu kire nga kiri waggulu wʼentebe eyʼokusaasira.

Ku lunaku Weema ya Mukama eyʼEndagaano lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi okutuusa ku makya ekire ekyali waggulu wa Weema ne kifaanana ngʼomuliro. Bwe kityo bwe kyabeeranga; ekire kyagibikkanga emisana naye ekiro ne kifaanana ngʼomuliro.

Naye nno mu mazima ddala nga bwe ndi omulamu, era ngʼekitiibwa kya Mukama Katonda bwe kijjuza ensi yonna,

Koola bwe yamala okukuŋŋaanya abagoberezi be abavuganya, ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeraga eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye.

Kyokka ekibiina kyʼabantu bwe baakuŋŋaana okusoomooza Musa ne Alooni ne bakyuka okwolekera Eweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, amangwago ekire ne kigibikka nʼekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeyoleka.

Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso gʼekibiina kyʼabantu ne balaga ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, ne bavuunama wansi. Ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kibalabikira.

Awo Mukama Katonda nʼalyoka azibula amaaso ga Balamu, nʼalaba malayika wa Mukama ngʼayimiridde wakati mu kkubo nʼekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe. Nʼawunzika omutwe gwe, ne yeevuunika wansi nʼavuunama.

Okulagula kwʼoyo awulira ekigambo kya Katonda, aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo alaba okulabikirwa kwʼAyinzabyonna eyeeyaze wansi, nʼamaaso ge nga gatunula.

“Walagibwa ebintu ebyo byonna olyoke otegeere nga Mukama ye Katonda; era nga awatali ye tewali mulala. Yakuleka nʼowulira eddoboozi lye nga liva mu ggulu alyoke akuyigirize. Yakulaga omuliro gwe omungi ennyo ku nsi, nʼowulira ebigambo bye nga biva mu muliro ogwo.

“Noolwekyo osaana okitegeerere ddala okuva ku lunaku lwa leero, era okinywereze ddala mu mutima gwo nti Mukama ye Katonda yekka ali waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi; so tewali mulala.

Ne mugamba nti, “Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye nʼobukulu bwe, era nʼeddoboozi lye ne tuliwulira nga lifuluma wakati mu muliro.

“Wulira, Ayi Isirayiri: Mukama Katonda waffe ali omu. Oyagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼomwoyo gwo gwonna, nʼamaanyi go gonna.

Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wʼabakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi.

Otyanga Mukama Katonda wo era muweerezenga. Munywererengako, era mu linnya lye mwʼonoolayiriranga. Oyo, lye ttendo lyo era ye Katonda wo, eyakukolera ebyamagero ebyo byonna ebikulu ggwe kennyini bye weerabirako nʼamaaso go.

Bwʼotoogonderenga na bwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino, nʼototya era nʼotossaamu kitiibwa erinnya lino eryʼettendo era eryʼentiisa, eriyitibwa: MUKAMA KATONDA WO,

Kubanga ndirangirira erinnya lya Mukama; mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe! Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu, nʼebikolwa bye byonna bya bwenkanya. Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa, Omwenkanya era omutereevu mu byonna.

Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye! Tewali katonda mulala wabula Nze; nzita era ne nzuukiza, nfumita era ne mponya; era tewali atangira mukono gwange nga gukola.

“Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni eyeebagala waggulu ku ggulu ngʼajja okukuyamba ne ku bire mu kitiibwa kye. Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo, era akuwanirira nʼemikono gye emirembe gyonna. Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba, nʼagamba nti, ‘Bazikirize!’

“Siriiko ludda. Nze mukulu wʼeggye lya Mukama era ntuuse.” Yoswa nʼagwa wansi, nʼavuunama nʼamusinza era nʼamubuuza nti, “Mukama wange, oŋŋamba ki omuddu wo?” Naye omukulu wʼeggye lya Mukama nʼamuddamu nti, “Yambulamu engatto zo kubanga ekifo kino mwʼoli kitukuvu.” Ne Yoswa naye nʼakola nga bwe yalagirwa.

Bakabona musanvu bajja kwambaliranga amakondeere agaakolebwa mu mayembe gʼendiga ennume, nga bakulembedde Essanduuko. Ku lunaku olwʼomusanvu balyetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe. Olunaawulira amakondeere nga gavuga, Abayisirayiri bonna baleekaanire waggulu era amangwago ekisenge kya bbugwe ekyetoolodde kineegonnomola wansi; amangwago Abayisirayiri bonna beefubitike ekibuga.”

Awo Abayisirayiri ne baleekaana nnyo, amakondeere bwe gaavuga. Amangu ennyo ngʼamakondeere gakavuga Abayisirayiri ne boogera nʼeddoboozi eryʼomwanguka, era ekisenge kya bbugwe ekyebunguludde ekibuga Yeriko ne kyegonnomola wansi. Awo ne bayingira ne bakiwamba.

Yoswa nʼabakulembeze bʼAbayisirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beesiiga enfuufu mu mitwe gyabwe era ne beeyala ku ttaka mu maaso gʼEssanduuko ya Mukama okuzibya obudde.

Muwulirize mmwe bakabaka, musseeyo omwoyo mmwe abalangira; nze kennyini, nze nnaayimbira Mukama; nze nnaayimbira Katonda wʼAbayisirayiri.

Malayika wa Mukama Katonda nʼamuddamu nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Lisukka okutegeera.” Awo Manowa nʼaddira akabuzi akato, nʼekiweebwayo ekyʼempeke, nʼabiwaayo nga ssaddaaka ku lwazi eri Mukama Katonda. Ne wabaawo ekyʼekyewuunyo nga Manowa ne mukazi we balaba. Omuliro bwe gwava mu Kyoto okugenda eri eggulu, malayika wa Mukama Katonda nʼakkira mu muliro gwʼekyoto. Manowa ne mukazi we bwe baamulaba, ne bagwa wansi ne bavuunama ngʼobwenyi bwabwe butuukira ddala ku ttaka.

Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda tewali mulala wabula ggwe; tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.

Dawudi nʼennyumba yonna eya Isirayiri ne bajaguliza mu maaso ga Mukama nʼamaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ennyimba nga bakuba ennanga, nʼentongooli, nʼebitaasa, nʼensaasi, nʼebirala.

Dawudi ngʼayambadde olugoye olwa linena, nʼazinira mu maaso ga Mukama nʼamaanyi ge gonna. Dawudi nʼennyumba ya Isirayiri yonna ne baleeta essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu, era nga bafuuwa nʼamakondeere. Awo essanduuko ya Mukama bwe yali ngʼereetebwa mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo, ngʼali mu ddirisa, nʼalengera kabaka Dawudi ngʼabuuka, ngʼazinira mu maaso ga Mukama, nʼamunyooma.

Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa, nʼandokola eri abalabe bange.

Mukama yabwatuka ngʼasinziira mu ggulu; Ali Waggulu Ennyo nʼayogera mu ddoboozi lye.

Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna, era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.

Awo bakabona bwe baava mu kifo ekitukuvu, ekire ne kibuna yeekaalu ya Mukama, bakabona nʼokuyinza ne batayinza kuweereza olwʼekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kibunye mu yeekaalu.

Awo Sulemaani nʼayimirira mu maaso gʼekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isirayiri nga kiraba, nʼayanjuluza emikono gye eri eggulu, nʼayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tewali Katonda akufaanana mu ggulu waggulu oba wansi ku nsi, gwe akuuma endagaano yo eyʼokwagala nʼokuuma nʼabaddu bo abatambulira mu maaso go nʼemitima gyabwe gyonna.

“Naye ddala Katonda anaabeeranga ku nsi? Laba, eggulu nʼeggulu lyʼeggulu terikumala, ne yeekaalu eno toyinza kugigyamu.

Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!”

Mikaaya nʼayogera nti, “Noolwekyo wulira ekigambo kya Mukama nti Nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe ye eyʼobwakabaka nga nʼeggye lyonna eryʼomu ggulu liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne mukono gwe ogwa kkono.

Keezeekiya nʼasaba eri Mukama ngʼagamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda owʼobwakabaka bwonna obwʼensi, era ggwe wakola eggulu nʼensi.

Dawudi ne Isirayiri yenna ne basanyuka nnyo mu maaso ga Katonda nʼamaanyi gaabwe gonna, nga bayimba nga bakuba entongooli, nʼennanga, nʼebitaasa, nʼebisaala, nʼamakondeere.

Awo Dawudi nʼalagira abakulembeze bʼAbaleevi okulonda baganda baabwe okuba abayimbi, nga bayimba ennyimba ezʼessanyu, nga bakuba ebivuga: entongooli, nʼennanga, nʼebitaasa.

Dawudi yali ayambadde olugoye olwa linena, ngʼAbaleevi bonna abaali basitudde essanduuko, era ngʼabayimbi ne Kenaniya eyali avunaanyizibwa okuyimba. Dawudi yali ayambadde nʼekkanzu eya linena. Awo Isirayiri yenna ne bambusa essanduuko eyʼendagaano ya Mukama nga baleekaana nʼamaloboozi agʼessanyu, nʼeddoboozi eryʼeŋŋombe, eryʼamakondeere, nʼebitaasa, era nga bakuba nnyo entongooli nʼennanga. Awo essanduuko eyʼendagaano ya Mukama bwe yali ngʼeyingizibwa mu kibuga kya Dawudi, Makali muwala wa Sawulo nʼalingiza mu ddirisa, nʼalaba Kabaka Dawudi ngʼazina era ngʼajjaguza, nʼamunyooma mu mutima gwe.

Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mumanyise ebikolwa bye mu mawanga. Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza mwogere ku byamagero bye byonna. Erinnya lye ligulumizibwe, nʼemitima gyʼabo abanoonya Mukama gisanyuke. Mutunuulire Mukama nʼamaanyi ge; munoonye amaaso ge ennaku zonna.

Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna; mulangirire obulokozi bwe buli lunaku. Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga, nʼebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna. Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa; era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna. Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi, naye Mukama ye yakola eggulu. Ekitiibwa nʼobukulu biri mu maaso ge, amaanyi nʼessanyu biri wamu naye. Muyimuse Mukama, mmwe ebika ebyʼamawanga, muyimusize Mukama ekitiibwa nʼamaanyi, Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge; musinze Mukama mu kitiibwa kyʼobutukuvu bwe. Mukankane mu maaso ge ensi yonna, weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa. Eggulu lisanyuke, nʼensi ejaguze; boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga! Ennyanja ewuume, nʼebigirimu byonna, nʼennimiro zijaguze, nʼokujjula kwazo! Awo emiti egyʼomu kibira ginaayimba, ginaayimbira Mukama nʼessanyu, kubanga akomawo okusalira ensi omusango.” “Weebaze Mukama kubanga mulungi; era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Mwogerere waggulu nti, ‘Tulokole, Ayi Katonda owʼobulokozi bwaffe; tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga, twebaze erinnya lyo ettukuvu, era tujagulize mu ttendo lyo. Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri owʼemirembe nʼemirembe.’ ” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”

Be baayimiriranga okwebazanga nʼokutenderezanga Mukama buli nkya na buli akawungeezi,

Awo Dawudi nʼatendereza Mukama mu lujjudde lwʼabantu bonna, nʼayogera nti, “Weebazibwe, Ayi Mukama Katonda, Katonda wa jjajjaffe Isirayiri, emirembe nʼemirembe. Obukulu, nʼamaanyi, nʼekitiibwa, nʼobuwanguzi, nʼokugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda, kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda, era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna. Obugagga nʼekitiibwa biva gyʼoli, era ggwe ofuga ebintu byonna; omukono gwo gwʼamaanyi era gwa buyinza era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna. Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza era tutendereza erinnya lyo eryʼekitiibwa.

Awo bakabona bonna ne bava mu Kifo Ekitukuvu. Bonna abaaliwo baali beetukuzizza, obutayawula mu bibiina byabwe. Abaleevi bonna abaali abayimbi, ngʼomwo mwe muli Asafu, Kemani, Yedusuni ne batabani baabwe nʼabʼeŋŋanda zaabwe nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa, nʼentongooli, nʼennanga, ne bayimirira ku luuyi olwʼebuvanjuba olwʼekyoto, wamu ne bakabona kikumi mu abiri abaafuuwanga amakondeere. Awo abaafuuwanga amakondeere nʼabayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi eryʼawamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba nʼebitaasa, nʼebivuga ebirala nga bayimba nti, “Mulungi, kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe nʼemirembe.” Awo yeekaalu ya Mukama nʼejjula ekire. Bakabona ne batasobola kukola mulimu gwabwe ogwʼobuweereza olwʼekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula yeekaalu ya Mukama.

Awo Sulemaani nʼayimirira mu maaso gʼekyoto kya Mukama mu maaso gʼekibiina kyonna ekya Isirayiri, nʼayimusa emikono gye. Yali akoze ekituuti ekyʼekikomo, ekyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu nʼobugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu, nʼobugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, era ngʼakitadde wakati mu luggya olwʼebweru era kye yali ayimiriddeko. Nʼafukamira mu maaso gʼekibiina kyonna ekya Isirayiri, nʼayimusa emikono gye eri eggulu. Nʼayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri tewali Katonda akufaanana mu ggulu newaakubadde ku nsi, atuukiriza endagaano ye eyʼokwagala eri abaddu be abatambulira mu maaso ge nʼemitima gyabwe gyonna.

“Naye ddala Katonda alituula nʼabantu ku nsi? Laba, eggulu nʼeggulu erisinga okuba erya waggulu toligyamu, kale ate olwo yeekaalu gye nzimbye gyʼoyinza okugyamu?

Awo Sulemaani bwe yamaliriza esaala ye, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka era nʼekitiibwa kya Mukama ne kijjula eyeekaalu. Bakabona ne batayinza kuyingira mu yeekaalu ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula eyeekaalu ya Mukama. Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, nʼekitiibwa kya Mukama nga kiri ku yeekaalu, ne bavuunama ku lubalaza ngʼamaaso gaabwe gatunudde wansi ne basinza era ne beebaza Mukama nga boogera nti, “Mulungi, era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, nʼAbaleevi nabo mu bifo byabwe nga bakutte ebivuga bya Mukama, kabaka Dawudi bye yali akoze olwʼokutenderezanga Mukama, buli lwe yeebazanga Mukama ngʼagamba nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Ku luuyi olwaddirira Abaleevi, bakabona ne bafuuwa amakondeere, Isirayiri yenna nʼayimirira.

Mikaaya nʼayongerako na bino nti, “Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama: Nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe ye eyʼobwakabaka nʼeggye lyonna eryʼomu ggulu nga liyimiridde okumwetooloola ku mukono gwe ogwa kkono.

Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, nʼalonda abasajja abʼokuyimbira Mukama, nʼokumutendereza olwʼekitiibwa kyʼobutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti, “Mwebaze Mukama kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

Kabaka Keezeekiya nʼabakungu ne balagira Abaleevi okuyimba nga batendereza Mukama mu bigambo bya Dawudi nʼebya Asafu omulabi. Ne bayimba nga batendereza nʼessanyu, ne bavuunama ne basinza.

Abayisirayiri abaali mu Yerusaalemi ne bakwata Embaga eyʼEmigaati Egitali Mizimbulukuse okumala ennaku musanvu nga bajjudde essanyu lingi; Abaleevi ne bakabona ne batenderezanga Mukama buli lunaku, nga bakuba nʼebivuga ebyʼokumutendereza.

Awo abazimbi bwe baamala okuzimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama, bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe ne bavaayo nga bakutte amakondeere, nʼabaleevi, bazzukulu ba Asafu, nga bakutte ebitaasa, ne bayimirira mu bifo byabwe okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isirayiri bwe yateekateeka. Ne bayimba ennyimba ezʼokwebaza nʼokutendereza Mukama nga boogera nti, “Mulungi, nʼokwagala kwe eri Isirayiri kubeerera emirembe gyonna.” Abantu bonna ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gwʼennyumba ya Mukama gwali guzimbiddwa.

Awo mu kiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi ne ngolokoka okuva we nnali ntudde, nʼekkanzu yange enjulifu nʼomunagiro gwange omuyulifu, ne nfukamira ne ngolola emikono gyange eri Mukama Katonda wange,

Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu; abantu bonna ne bayimusa emikono gyabwe ne baddamu nti, “Amiina! Amiina!” Ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka ne basinza Mukama.

Bano be Baleevi abaali bayimiridde ku madaala: Yesuwa, ne Baani, ne Kadumyeri, ne Sebaniya, ne Bunni, ne Serebiya, ne Baani ne Kenani, abaakoowoolanga Mukama Katonda waabwe mu ddoboozi eryʼomwanguka. Awo Abaleevi, Yesuwa, ne Kadumyeri, ne Baani, ne Kasabuneya, ne Serebiya, ne Kodiya, ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti, “Muyimirire, mwebaze Mukama Katonda wammwe owʼemirembe nʼemirembe. Erinnya lyo ligulumizibwe, litiibwe era ligulumizibwe okukira okusinza kwonna nʼokutendereza kwonna. Ggwe wekka, ggwe Mukama, era ggwe wakola eggulu, nʼeggulu erya waggulu, nʼeggye lyalyo lyonna, nʼensi nʼebigirimu byonna, nʼennyanja nʼebigirimu byonna. Buli kintu gwʼokiwa obulamu, era nʼeggye eryʼomu ggulu likusinza.”

Emisana, empagi eyʼekire teyalekerawo kubaluŋŋamya mu kkubo lyabwe, newaakubadde ekiro, empagi eyʼomuliro nayo teyalekerawo kubaakira mu kkubo lye baali bateekwa okukwata.

Awo okutukuza kwa bbugwe wa Yerusaalemi bwe kwatuuka, ne banoonya Abaleevi okuva gye baabeeranga, ne baleetebwa e Yerusaalemi okujaguza nga bwe bayimba nʼokukuba ebitaasa nʼentongooli nʼennanga.

Mu biro ebyʼedda, mu biseera bya Dawudi ne Asafu, waabangawo abakulu bʼabayimbi, ate nga waliwo nʼennyimba ezaayimbibwanga okutendereza Katonda.

Yobu olwawulira bino byonna, nʼagolokoka nʼayuza ebyambalo bye nʼamwa omutwe gwe, nʼavuunama nʼasinza: nʼagamba nti, “Nazaalibwa sirina kantu era bwe ntyo bwe ndiddayo. Mukama ye yawa era Mukama yʼaggyeewo, erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.”

Naye nze, nzija kunoonya Katonda era mmulekere ensonga zange. Akola ebikulu, ebitanoonyezeka, ebyewuunyisa ebitabalika.

“Osobola okupima ebyama bya Katonda? Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna nʼomumalayo?

“Naye bwʼowaayo omutima gwo gyʼali, nʼogolola emikono gyo gyʼali,

Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu, era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi. Era ngʼolususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda; nze mwene ndimulaba, nʼamaaso gange, Nze, so si mulala. Emmeeme yange ngʼeyaayaana munda mu nze!

awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo, era ffeeza esingayo obulungi. Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna era oyimuse amaaso go eri Katonda.

“Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge; ani ayigiriza nga ye? Ani eyali amukubidde amakubo, oba okumugamba nti, ‘Kyʼokoze si kituufu?’ Jjukira ngʼoteekwa okugulumizanga emirimu gye, abantu gye bayimba mu nnyimba.

“Kino kikankanya omutima gwange, ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo. Wuliriza okubwatuka kwʼeddoboozi lye, nʼokuwuluguma okuva mu kamwa ke. Asumulula eggulu ne limyansa wansi wʼeggulu wonna, nʼaliragira ligende ku nkomerero yʼensi. Kino oluggwa, okuwuluguma kwʼeddoboozi lye kwe kuddako, abwatuka nʼeddoboozi lye eryʼomwanguka, era eddoboozi lye bwe liwulirwa, tewabaawo kisigala nga bwe kibadde. Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri eyʼekitalo; akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe.

Omanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga, amakula gʼemirimu gyʼoyo eyatuukirira mu kumanya?

Mu bukiikakkono evaayo zaabu; Katonda ajja mu kitiibwa ekyʼamaanyi. Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi, mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna.

Naye Katonda oyo atuula mu ggulu, abasekerera busekerezi, nʼenkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.

Nʼabagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”

Nneebazanga Mukama olwʼobutuukirivu bwe; nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Ya Mukulu wa Bayimbi: ya Gitisi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! Ekitiibwa kyo kitenderezebwa okutuuka waggulu mu ggulu.

Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Ya Mukulu wa Bayimbi: ya Kimusulabbeni. Zabbuli ya Dawudi. Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama nʼomutima gwange gwonna; nnaayolesanga ebikolwa byo ebyʼekitalo byonna. Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe. Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe eyʼobwakabaka mu Sayuuni; mutegeeze amawanga gonna byʼakoze.

Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu mu miryango gyʼomuwala wa Sayuuni: era njagulizenga mu bulokozi bwo.

Mukama ye Kabaka emirembe nʼemirembe. Amawanga galizikirizibwa mu nsi ye.

Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu; Mukama atudde ku ntebe ye eyʼobwakabaka eri mu ggulu. Amaaso ge gatunuulira era geetegereza abaana bʼabantu.

Nnaayimbiranga Mukama, kubanga ankoledde ebirungi.

Onkuume ngʼemmunye eyʼeriiso lyo; onkweke mu kisiikirize kyʼebiwaawaatiro byo.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo. Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange. Mukama lwe lwazi lwange, kyʼekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange, ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka; ye ngabo yange era ye mulokozi wange owʼamaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu. Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa, era amponya eri abalabe bange.

Mukama yabwatuka ngʼasinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera; mu kamwa ke ne muvaamu omuzira nʼokumyansa kwʼeggulu.

Katonda byonna byʼakola bigolokofu; Mukama kyʼasuubiza akituukiriza; era bwe buddukiro bwʼabo bonna abamwekwekamu. Kale, ani Katonda, wabula Mukama? Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?

Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange; era agulumizibwe Katonda wʼobulokozi bwange.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda, ebbanga ne litegeeza emirimu gyʼemikono gye.

Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go. Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.

Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe, era ettendo lya Isirayiri yonna.

Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda; nnaakutenderezanga mu kibiina kyʼabantu. Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga. Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga; era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna. Kubanga tanyooma kwaziirana kwʼabo abali mu nnaku, era tabeekweka, wabula abaanukula bwe bamukoowoola. Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olwʼebyo byʼonkoledde. Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya. Abaavu banaalyanga ne bakkuta, abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga. Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna. Ensi zonna zirijjukira ne zikyukira Mukama, ebika byonna ebyʼamawanga gonna birimuvuunamira. Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama, era yʼafuga amawanga gonna. Abagagga bonna abʼomu nsi balirya embaga, ne bamusinza. Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira, abatakyali balamu.

Mweggulewo, mmwe bawankaaki! Muggulwewo, mmwe enzigi ezʼedda, Kabaka owʼekitiibwa ayingire. Kabaka owʼekitiibwa ye ani? Ye Mukama owʼamaanyi era owʼobuyinza, omuwanguzi mu ntalo. Mweggulewo, mmwe bawankaaki, Muggulwewo mmwe enzigi ezʼedda! Kabaka owʼekitiibwa ayingire. Kabaka owʼekitiibwa oyo ye ani? Mukama Ayinzabyonna; oyo ye Kabaka owʼekitiibwa.

Ekintu kimu kye nsaba Mukama, era ekyo kye nnoonya: okubeeranga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ezʼobulamu bwange, ne ndabanga obulungi bwa Mukama, era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.

Olwo ononnyimusanga waggulu wʼabalabe bange abanneetoolodde. Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza nʼeddoboozi eryʼomwanguka olwʼessanyu; nnaayimbiranga Mukama ennyimba ezʼokumutenderezanga. Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola; onkwatirwe ekisa onnyanukule! Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.” Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”

Mukama ge maanyi gange, era ye ngabo yange, ye gwe neesiga. Bwe ntyo ne nyambibwa. Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ezʼokumwebazanga.

Zabbuli ya Dawudi Mutendereze Mukama, mmwe abaana bʼabʼamaanyi. Mutendereze Mukama nʼekitiibwa nʼamaanyi. Mutendereze Mukama nʼekitiibwa ekisaanira erinnya lye; musinze Mukama mu kitiibwa ekyʼobutukuvu bwe. Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi; Katonda owʼekitiibwa abwatuka, nʼeddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi. Eddoboozi lya Mukama lyʼamaanyi; eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.

Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule, nʼemiti mu bibira ne gitasigalako makoola. Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!” Mukama atuula waggulu wʼamataba ku ntebe ye eyʼobwakabaka. Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.

Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be; mutendereze erinnya lye ettukuvu.

Ofudde okwaziirana kwange amazina; onnyambuddemu ebibukutu, nʼonnyambaza essanyu; Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ezʼokukutenderezanga. Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.

Zabbuli ya Dawudi Muyimbire Mukama nʼessanyu mmwe abatuukirivu; kisaanira abalongoofu okumutenderezanga. Mutendereze Mukama nʼennanga, mumukubire ennyimba ku ntongooli eyʼenkoba ekkumi. Mumuyimbire oluyimba oluggya; musune enkoba ze ntongooli nʼamagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi eryʼomwanguka olwʼessanyu.

Okutendereza Mukama nʼokumwesiga Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera, akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo. Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama; ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga. Kale tutendereze Mukama, ffenna tugulumizenga erinnya lye.

Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu, ne nkutenderezanga mu kibiina kyʼabantu abangi ennyo.

Abo abasanyuka ngʼannejjeereza, baleekaanire waggulu olwʼessanyu nʼokujaganya; era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe, asanyuka omuweereza we ngʼatebenkedde.” Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo, era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.

Anjigirizza oluyimba oluggya, oluyimba olwʼokutenderezanga Katonda waffe. Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama nʼokumwesiganga.

Naye abo abakunoonya basanyuke era bajaguze; abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Mukama agulumizibwenga.”

Onnywezezza mu bwesimbu bwange, ne mbeera mu maaso go ennaku zonna. Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri, oyo eyabaawo okuva edda nʼedda lyonna nʼokutuusa emirembe gyonna. Amiina era Amiina.

Ya Mukulu wa Bayimbi: Masukiri ya Batabani ba Koola Ngʼempeewo bwʼewejjawejja olwʼamazzi, nʼemmeeme yange bwʼetyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda. Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu. Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?

Mukama alaga okwagala kwe emisana nʼekiro ne muyimbira oluyimba lwe; yʼessaala eri Katonda wʼobulamu bwange.

Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda, eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika. Weewaawo nnaakutenderezanga nʼennanga, Ayi Katonda, Katonda wange.

Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe owʼamaanyi, yambala ekitiibwa kyo nʼobukulu bwo! Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo ekyʼobuwanguzi, ngʼolwanirira amazima, obuwombeefu, nʼobutuukirivu. Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.

Entebe yo eyʼobwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera; nʼomuggo ogwʼobwenkanya gwe guliba ogwʼobwakabaka bwo.

Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna. Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe nʼemirembe.

Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda. Nnaagulumizibwanga mu mawanga. Nnaagulumizibwanga mu nsi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna; muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ezʼessanyu; Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa. Ye Kabaka afuga ensi yonna.

Katonda alinnye waggulu ngʼatenderezebwa mu maloboozi agʼessanyu eringi. Mukama alinnye nga nʼamakondeere gamuvugira. Mutendereze Katonda, mumutendereze. Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze. Kubanga Katonda ye Kabaka wʼensi yonna, mumutendereze ne Zabbuli eyʼettendo. Katonda afuga amawanga gonna; afuga amawanga ngʼatudde ku ntebe ye entukuvu. Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye ngʼabantu ba Katonda wa Ibulayimu; Kubanga Katonda yʼafuga abakulembeze bʼensi. Katonda agulumizibwenga nnyo.

Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.

Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna; yʼanaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.

Owangayo ssaddaaka eyʼokwebaza eri Katonda; era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo. Bwʼobanga mu buzibu, nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.

Oyo awaayo ssaddaaka eyʼokwebaza angulumiza, era ateekateeka ekkubo ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”

Ondokole mu kibi ekyʼokuyiwa omusaayi, Ayi Katonda, ggwe Katonda owʼobulokozi bwange; olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo. Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange, nʼakamwa kange kanaakutenderezanga.

Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu; nʼekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda, omutima gwange munywevu. Nnaakutenderezanga nʼennyimba.

Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go; mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange. Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.

Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna, nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.

Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda. Ayi Katonda, oli Katonda wange, nkunoonya nʼomutima gwange gwonna; emmeeme yange ekwetaaga, omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira, nga nnina ennyonta ngʼali mu nsi enkalu omutali mazzi. Nkulabye ngʼoli mu kifo kyo ekitukuvu, ne ndaba amaanyi go nʼekitiibwa kyo. Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu; akamwa kange kanaakutenderezanga. Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna; nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo. Emmeeme yange enekkutanga ebyassava nʼobugagga; nnaayimbanga nga nkutendereza nʼemimwa egyʼessanyu. Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange, era nkufumiitirizaako mu ssaawa ezʼekiro.

Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda; bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda, naye akamwa kʼabalimba kalisirisibwa.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni; tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gyʼoli.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi. Yimbira Mukama nʼeddoboozi eryʼomwanguka, ggwe ensi yonna. Muyimbe ekitiibwa kyʼerinnya lye. Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta. Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa! Olwʼamaanyi go amangi abalabe bo bakujeemulukukira. Abʼomu nsi yonna bakuvuunamira, bakutendereza, bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”

Afuga nʼamaanyi ge emirembe gyonna; amaaso ge agasimba ku mawanga, abʼomutima omujeemu baleme okumujeemera. Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga; eddoboozi eryʼokumutendereza liwulirwe wonna.

Muyimbire Katonda, muyimbe nga mutendereza erinnya lye; mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire. Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.

ensi yakankana, eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda; nʼolusozi Sinaayi ne lukankana awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!

Muyimbire Mukama mmwe obwakabaka obwʼensi zonna. Mutendereze Mukama. Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu eryʼedda, eddoboozi lye eryʼamaanyi liwuluguma okuva mu ggulu. Mulangirire obuyinza bwa Katonda, ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri; obuyinza bwe buli mu bire. Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu. Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza nʼamaanyi. Katonda atenderezebwe.

Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba; nnaamugulumizanga nʼokwebaza.

Kale eggulu nʼensi bimutenderezenga awamu nʼennyanja zonna nʼebyo ebizirimu.

Naye bonna abakunoonya basanyukenga bajagulizenga mu ggwe. Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Katonda agulumizibwenga!”

Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa; ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange. Nnaakutenderezanga ennaku zonna. Eri abangi nafuuka; naye ggwe kiddukiro kyange ekyʼamaanyi. Akamwa kange kajjudde ettendo lyo, nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.

Naye nze nnaabanga nʼessuubi ennaku zonna. Era nneeyongeranga okukutenderezanga.

Nnaakutenderezanga ne nnanga eyʼenkoba olwʼobwesigwa bwo, Ayi Katonda wange; nnaakutenderezanga nʼentongooli, Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri. Nnaayimusanga eddoboozi lyange olwʼessanyu nga nkutendereza, nze gwʼonunudde!

Ebika ebyʼomu malungu bimugonderenga, nʼabalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.

Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge; amawanga gonna ganaamuweerezanga,

Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna, nʼokwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ngʼenjuba. Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lwʼerinnya lye, era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa. Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri, oyo yekka akola ebyewuunyisa. Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe nʼemirembe! Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye. Amiina era Amiina!

Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama, weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo ebyʼedda. Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna ebyʼamaanyi; nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna. Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu. Tewali katonda yenkana Katonda waffe. Ggwe Katonda akola ebyʼamagero; era amaanyi go ogalaga mu mawanga.

Emisana yabakulemberanga nʼekire, nʼekiro nʼabakulemberanga nʼempagi eyʼomuliro.

Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe; era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.

Ya Mukulu wʼAbayimbi; Zabbuli ya Asafu Mumuyimbire nnyo nʼessanyu Katonda amaanyi gaffe; muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo! Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa nʼennanga evuga obulungi eyʼenkoba awamu nʼentongooli.

Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggwʼoyitibwa YAKUWA, gwʼobeera waggulu ennyo ngʼofuga ensi yonna.

Ya Mukulu wʼAbayimbi, Zabbuli ya Batabani ba Koola Eweema zo nga nnungi, Ayi Mukama owʼEggye! Omwoyo gwange guyaayaana, gwagala na kuzirika, olwʼempya za Mukama, omutima gwange nʼomubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu. Weewaawo, ne nkazaluggya yeekoledde ekisu, nʼakataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo awo okumpi nʼEbyoto byo, Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange. Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo, banaakutenderezanga.

Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda ganajjanga mu maaso go ne gakusinza; era ne bagulumiza erinnya lyo eryʼekitiibwa. Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa; ggwe wekka ggwe Katonda. Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama, ntambulirenga mu mazima go; ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana, ntyenga erinnya lyo. Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, nʼomutima gwange gwonna; erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.

Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti, “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”

Amaaso gange gayimbadde olwʼennaku. Nkukoowoola buli lunaku, Ayi Mukama, ne ngolola emikono gyange gyʼoli nga nkwegayirira.

Endagaano ya Katonda ne Dawudi. Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna. Nnaatenderezanga obwesigwa bwo nʼakamwa kange, bumanyibwe abʼemirembe gyonna.

Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo nʼobwesigwa bwo, Ayi Mukama, mu kibiina kyʼabatukuvu bo. Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama? Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu? Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olwʼabatukuvu; era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.

Obutuukirivu nʼobwenkanya gwe musingi gwʼobwakabaka bwo. Okwagala nʼobwesigwa bye binaakukulemberanga.

Kubanga gwʼobawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa. Olwʼokwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olwʼekisa kyo. Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe, Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.

Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe ekyʼokubeeramu emirembe gyonna. Ensozi nga tezinnabaawo, nʼensi yonna nga tonnagitonda; okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero yʼemirembe gyonna, ggwe Katonda.

Obwesige bwʼoyo atya Katonda. Oyo abeera mu kifo ekyʼekyama ekyʼoyo Ali Waggulu Ennyo; aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.

Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti Kirungi okwebazanga Mukama, nʼokuyimba ennyimba nʼokutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;

Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa. Mukama ayambadde ekitiibwa era yeesibye amaanyi. Ensi yanywezebwa; teyinza kunyeenyezebwa. Entebe yo eyʼobwakabaka yanywezebwa okuva edda nʼedda. Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe. Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama; ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo, nʼamazzi gʼennyanja gayira. Mukama, Ali Waggulu Ennyo, oli wa maanyi okusinga okuyira kwʼamazzi amangi; oli wa maanyi okusinga amayengo gʼennyanja. Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu, nʼobutukuvu bujjudde ennyumba yo, ennaku zonna.

Mujje tuyimbire Mukama; tuyimbire waggulu nʼessanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olwʼobulokozi bwaffe. Tujje mu maaso ge nʼokwebaza; tumuyimbire ennyimba ezʼokumutendereza. Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu; era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.

Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya; muyimbire Mukama mmwe ensi yonna. Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye, mulangirire obulokozi bwe buli lukya. Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna, ebyʼamagero bye mubimanyise abantu bonna. Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa; asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna. Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi; naye Mukama ye yakola eggulu. Ekitiibwa nʼobukulu bimwetooloola; amaanyi nʼobulungi biri mu nnyumba ye entukuvu. Mugulumize Mukama mmwe abantu mwenna; mutende amaanyi ga Mukama nʼekitiibwa kye. Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze. Musinze Mukama mu kitiibwa ekyʼobutuukirivu bwe. Ensi yonna esinze Mukama nʼokukankana. Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama yʼafuga. Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako; Mukama aliramula abantu mu bwenkanya. Kale eggulu lisanyuke nʼensi ejaguze; ennyanja eyire ne byonna ebigirimu. Ennimiro nʼebirime ebizirimu bijaguze; nʼemiti gyonna egyʼomu kibira nagyo gimutendereze nʼennyimba ezʼessanyu. Kubanga Mukama ajja; ajja okusalira ensi omusango. Mukama aliramula ensi mu butuukirivu, nʼabantu bonna abalamule mu mazima.

Mukama afuga; ensi esanyuke, nʼembalama eziri ewala zijaguze. Ebire nʼekizikiza bimwetooloola; obutuukirivu nʼobwenkanya gwe musingi gwʼentebe yʼobwakabaka bwe.

Ensozi zisaanuuka ngʼenvumbo awali Mukama, mu maaso ga Mukama owʼensi yonna. Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe; nʼabantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.

Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi; ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.

Zabbuli Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, kubanga akoze ebyʼekitalo. Omukono gwe ogwa ddyo, era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.

Muyimbire Mukama nʼessanyu lingi mwe ensi yonna; muyimbe ennyimba mu maloboozi agʼessanyu. Mutendereze Mukama nʼennanga ezʼenkoba; nʼennanga ezʼenkoba nʼamaloboozi agʼokuyimba, nʼamakondeere nʼeddoboozi lyʼeŋŋombe. Muyimbe nʼessanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka. Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu, nʼensi ne byonna ebigirimu bijaguze. Emigga gikube mu ngalo nʼensozi zonna ziyimbire wamu olwʼessanyu;

Mukama afuga, amawanga gakankane; atuula wakati wa bakerubi, ensi ekankane. Mukama mukulu mu Sayuuni; agulumizibwa mu mawanga gonna. Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era eryʼentiisa. Mukama mutukuvu. Ye Kabaka owʼamaanyi, ayagala obwenkanya. Onywezezza obwenkanya; era byʼokoledde Yakobo bya bwenkanya era bituufu. Mumugulumize Mukama Katonda waffe; mumusinzize wansi wʼentebe yʼebigere bye. Mukama mutukuvu.

Mugulumizenga Mukama Katonda waffe, mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu, kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.

Zabbuli eyʼokwebaza. Muleetere Mukama eddoboozi eryʼessanyu mmwe ensi zonna; Muweereze Mukama nʼessanyu; mujje mu maaso ge nʼennyimba ezʼessanyu. Mumanye nga Mukama ye Katonda; ye yatutonda, tuli babe, tuli bantu be era endiga ezʼomu ddundiro lye. Muyingire mu miryango gye nga mwebaza, ne mu mpya ze nʼokutendereza; mumwebaze mutendereze erinnya lye. Kubanga Mukama mulungi, nʼokwagala kwe kwa lubeerera; nʼobwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Zabbuli Ya Dawudi Nnaayimbanga ku kwagala kwo nʼobutuukirivu bwo; nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.

Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama; ne bakabaka bonna abʼensi banaakankananga olwʼekitiibwa kyo. Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto, era nʼalabika mu kitiibwa kye.

Ku ntandikwa wassaawo omusingi gwʼensi; nʼeggulu gyʼemirimu gyʼemikono gyo. Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera. Byonna birikaddiwa ngʼebyambalo. Olibikyusa ngʼebyambalo, ne bisuulibwa. Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera nʼemyaka gyo tegirikoma.

Zabbuli Ya Dawudi Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, era teweerabiranga birungi bye byonna.

Mukama anywezezza entebe ye eyʼobwakabaka mu ggulu, nʼobwakabaka bwe bufuga ensi yonna.

Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be, mmwe abʼamaanyi abakola kyʼagamba, era abagondera ekigambo kye. Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge agʼomu ggulu, mmwe abaweereza be abakola byʼayagala. Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna ebiri mu matwale ge gonna. Weebaze Mukama ggwe emmeeme yange.

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo; ojjudde obukulu nʼekitiibwa. Yeebika ekitangaala ngʼayeebikka ekyambalo nʼabamba eggulu ngʼeweema,

Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo! Byonna wabikola nʼamagezi agʼekitalo; ensi ejjudde ebitonde byo. Waliwo ennyanja, nnene era ngazi, ejjudde ebitonde ebitabalika, ebintu ebirina obulamu ebinene era nʼebitono.

Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna; era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola. Atunuulira ensi, nʼekankana; bwʼakwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka. Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna; nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu. Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga; kubanga mu Mukama mwe neeyagalira. Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi; aboonoonyi baleme kulabikirako ddala. Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange. Mumutenderezenga Mukama.

Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye; amawanga gonna mugategeeze byʼakoze. Mumuyimbire, mumutendereze; muyimbe ku byamagero bye. Mumusuute, ngʼerinnya lye ettukuvu muligulumiza; emitima gyʼabo abanoonya Mukama gijjule essanyu. Munoonye Mukama nʼamaanyi ge; mumunoonyenga ennaku zonna. Mujjukirenga ebyʼekitalo bye yakola, ebyamagero bye, nʼemisango gye yasala;

Mumutendereze Mukama! Mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna. Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama byʼakola nʼabimalayo, oba okumutendereza obulungi nga bwʼasaanira?

Ayi Mukama Katonda, otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga, tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu, era tusanyukenga nga tukutendereza. Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri, emirembe nʼemirembe. Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!” Mumutendereze Mukama.

Mwebaze Mukama, kubanga mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyosnna.

Bamugulumizenga ngʼabantu bakuŋŋaanye, era bamutenderezenga mu lukiiko lwʼabakulu.

Oluyimba. Zabbuli ya Dawudi Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda; nnaayimbanga ne nkutendereza nʼomwoyo gwange gwonna. Muzuukuke, mmwe entongooli nʼennanga eyʼenkoba, nzija kuyimba okukeesa obudde. Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna, nnaakuyimbiranga mu mawanga gonna. Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu; nʼobwesigwa bwo butuuka ku bire. Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu; nʼekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

Nneebazanga Mukama nʼakamwa kange; nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.

Mutendereze Mukama! Nneebazanga Mukama nʼomutima gwange gwonna, mu lukiiko lwʼabalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana. Mukama byʼakola bikulu; bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira. Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa, nʼobutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.

Yanunula abantu be; nʼalagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna. Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa! Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu. Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.

Mutendereze Mukama! Mumutendereze, mmwe abaweereza be, mutendereze erinnya lya Mukama. Erinnya lya Mukama litenderezebwe okuva leero nʼokutuusa emirembe gyonna. Enjuba weeviirayo okutuusa bwʼegwa, erinnya lya Mukama litenderezebwenga.

Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna, era nʼekitiibwa kye kisinga eggulu. Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, atuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka eri waggulu ennyo, ne yeetoowaza okutunuulira eggulu nʼensi?

Si ffe, Ayi Mukama, si ffe. Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa, olwʼokwagala kwo nʼolwʼobwesigwa bwo.

Naye ffe tunaatenderezanga Mukama, okuva leero nʼokutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama!

Ndiwaayo ekiweebwayo ekyʼokwebaza, ne nkoowoola erinnya lya Mukama. Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso gʼabantu be bonna, mu mpya zʼennyumba ya Mukama; wakati wo, ggwe Yerusaalemi. Mutendereze Mukama.

Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna; mumugulumize, mmwe amawanga gonna. Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli; nʼobwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera. Mutendereze Mukama.

Abo abatya Mukama boogere nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa; omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”

Nkwebaza kubanga onnyanukudde nʼofuuka obulokozi bwange. Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ekkulu eryʼoku nsonda. Kino Mukama ye yakikola; era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe. Luno lwe lunaku Mukama lwʼakoze; tusanyuke tulujagulizeeko.

Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga; ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga. Mwebaze Mukama kubanga mulungi, nʼokwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu, nnaakutenderezanga nʼomutima omulungi.

Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza, olwʼebiragiro byo ebituukirivu.

Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu olwʼamateeka go amatuukirivu.

Akamwa kange kanaakutenderezanga, kubanga gwʼonjigiriza amateeka go.

Kale tugende mu kifo kye mwʼabeera, tumusinzirize awali entebe yʼebigere bye.

Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu, mutendereze Mukama.

Mutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama. Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama; mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama, mu mpya zʼennyumba ya Katonda waffe. Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi; mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.

Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe; yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi. Mutendereze Mukama.

Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Mwebaze Mukama wʼabafuzi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Kale mwebaze Katonda wʼeggulu, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Zabbuli Ya Dawudi Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, nʼomutima gwange gwonna; ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza. Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu, ne ntendereza erinnya lyo olwʼokwagala kwo nʼolwʼobwesigwa bwo; kubanga wagulumiza ekigambo kyo nʼerinnya lyo okusinga ebintu byonna. Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula; nʼonnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange. Bakabaka bonna abʼomu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama, nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko. Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama; kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri eyʼentiisa era eyʼekitalo; emirimu gyo gya kyewuunyo; era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.

Ngolola emikono gyange gyʼoli, ne nkuyaayaanira ngʼettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.

Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya; nnaakukubiranga ennanga eyʼenkoba ekkumi,

Oluyimba lwa Dawudi olwʼokutendereza. Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange; era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe nʼemirembe. Nnaakutenderezanga buli lunaku; era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe nʼemirembe. Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo, nʼobukulu bwe tebwogerekeka. Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo, era gunaatendanga emirimu gyo egyʼamaanyi. Nnaatendanga obukulu nʼobulungi bwʼekitiibwa kyo, era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa. Abantu banaatendanga amaanyi gʼebikolwa byo ebyʼekitalo, nange nnaatendanga obukulu bwo obwʼekitiibwa. Banaayogeranga ku bulungi bwo obwʼekitalo nga bajaguza; era banaayimbanga olwʼobutuukirivu bwo.

Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama; nʼabatukuvu bo banaakugulumizanga. Banaayogeranga ku kitiibwa kyʼobwakabaka bwo, era banaatendanga amaanyi go. Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo ebyʼamaanyi, nʼekitiibwa kyʼobukulu obwʼobwakabaka bwo. Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera, nʼobufuzi bwo bwa mirembe na mirembe. Mukama byʼayogera byonna bya bwesigwa, nʼebikolwa bye bijjudde okusaasira.

Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama, era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu emirembe nʼemirembe.

Tendereza Mukama! Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange! Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ezʼobulamu bwange; nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.

Mukama anaafuganga emirembe gyonna, Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe. Mutendereze Mukama!

Mutendereze Mukama! Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe; kubanga ajjudde ekisa, nʼoluyimba olwʼokumutenderezanga lumusaanira.

Mukama ategeka omuwendo gwʼemmunyeenye; era buli emu nʼagituuma erinnya. Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi gʼobuyinza bwe tegatendeka, nʼokutegeera kwe tekuliiko kkomo. Mukama awanirira abawombeefu, naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi. Muyimbire Mukama ennyimba ezʼokumwebaza; mumukubire entongooli ezivuga obulungi.

Mutendereze Mukama! Mumutendereze nga musinziira mu ggulu, mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu. Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be, mumutendereze mmwe mwenna eggye lye eryʼomu ggulu. Mmwe enjuba nʼomwezi mutendereze Mukama, nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze. Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo, naawe amazzi agali waggulu wʼeggulu. Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama! Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa. Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna, nʼateekawo etteeka eritaliggwaawo.

Mumutendereze nga musinziira ku nsi, mmwe balukwata nʼebifo byonna ebyʼomu buziba bwʼennyanja, mmwe okumyansa, nʼomuzira ogwʼamakerenda, nʼomuzira ogukutte era nʼolufu, naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye, mmwe agasozi nʼobusozi, emiti egyʼebibala nʼemivule; ensolo ezʼomu nsiko era nʼente zonna, ebyewalula nʼebinyonyi ebibuuka, bakabaka bʼensi nʼamawanga gonna, abalangira nʼabafuzi bonna abʼensi, Abavubuka abalenzi nʼabawala; abantu abakulu nʼabaana abato. Bitendereze erinnya lya Mukama, kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa; ekitiibwa kye kisinga byonna ebyʼomu nsi nʼebyʼomu ggulu.

Mutendereze Mukama! Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, mumutenderereze wamu nʼekibiina kyʼabatukuvu. Isirayiri asanyukirenga eyamutonda; nʼabantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe! Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina, bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga nʼebitaasa. Kubanga Mukama asanyukira abantu be, nʼabawombeefu abawa engule eyʼobulokozi. Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino; bayimbire ku bitanda byabwe olwʼessanyu. Batenderezenga Katonda waabwe, bakwate ekitala ekyʼobwogi obubiri,

Mutendereze Mukama! Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu; mumutenderereze ne mu ggulu lye eryʼamaanyi. Mumutendereze olwʼebikolwa bye ebiraga amaanyi ge; mumutendereze olwʼobukulu bwe obusukkiridde. Mumutendereze nʼeddoboozi eryʼekkondeere, mumutendereze nʼennanga eyʼenkoba nʼendere. Mumutendereze nʼebitaasa nʼamazina; mumutendereze nʼebivuga ebyʼenkoba nʼendere! Mumutendereze nga mukuba ebitaasa; mumutendereze nʼebitaasa ebivuga ennyo! Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama! Mutendereze Mukama.

“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era nʼokumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

Ani eyali alinnye mu ggulu nʼakka? Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu kyʼengalo ze? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyatonda enkomerero zonna ezʼensi? Erinnya lye yʼani, ne mutabani we yʼani? Mbulira obanga obimanyi.

Leka annywegere nʼemimwa gye kubanga okwagala kwo kusinga wayini, nʼamafuta go gawunya akaloosa akalungi; erinnya lyo liri ngʼamafuta agattululwa, era abawala kyebava bakwagala. Baako ne gyʼontwala, yanguwa! Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye. Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu; era tunaatendereza okwagala kwo okusinga wayini. Nga batuufu okukwegomba!

Ani oyo ajja ngʼava mu ddungu, afaanana ngʼempagi eyʼomukka, asaabye ebyakaloosa ebya mooli nʼomugavu, okuva mu byʼakaloosa byonna ebyʼomusuubuzi?

Zuukuka gwe empewo eyʼobukiikakkono, naawe empewo eyʼobukiikaddyo jjangu. Mukuntire ku nnimiro yange, akaloosa, kaayo akalungi kasaasaane wonna, Muleke muganzi wange ajje mu nnimiro ye, alye ebibala byamu ebyʼomuwendo.

Mugende mwekweke mu njazi, mwekweke mu binnya wansi mu ttaka, nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda, nga mudduka entiisa yʼekitiibwa kyʼobukulu bwe.

Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja, ne mu binnya mu ttaka, nga badduka entiisa nʼekitiibwa kyʼobukulu bwa Mukama Katonda, bwaliyimuka okukankanya ensi nʼamaanyi.

Balidduka ne beekukuma mu mpuku ezʼamayinja amaatifu nga badduka entiisa nʼekitiibwa kyʼobukulu bwa Mukama Katonda, bwaliyimuka okukankanya ensi.

Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obwʼemisana, nʼomukka nʼokumasaamasa ngʼomuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna ekyʼolusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda.

Naye Mukama Katonda owʼEggye aligulumizibwa olwʼobwenkanya, era Katonda Omutukuvu yeerage nga bwʼali omutukuvu mu butuukirivu bwe.

Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe empanvu ngʼagulumizibbwa, nʼekirenge kyʼekyambalo kye nga kijjula yeekaalu. Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ngʼalina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, nʼebibiri ngʼabibuusa. Buli omu yali ngʼayogera ne munne nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.” Nʼemisingi gyʼemiryango ne ginyeenyezebwa olwʼeddoboozi lyʼoyo eyali akoowoola mu ddoboozi eryʼomwanguka, yeekaalu nʼejjula omukka. Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu owʼemimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu abʼemimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama Katonda owʼEggye!”

Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, nʼokufuga kunaabanga ku bibegabega bye. Nʼerinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi wʼamagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe owʼEmirembe Gyonna, Omulangira wʼEmirembe. Okufuga kwe nʼemirembe biryeyongeranga obutakoma. Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe, nʼokubuwanirira nʼobwenkanya nʼobutuukirivu okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Obumalirivu bwa Mukama Katonda owʼEggye bulikituukiriza ekyo.

Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye, Mwoyo owʼamagezi nʼokutegeera ne Mwoyo wʼokusala ensonga, nʼowʼamaanyi ne Mwoyo wʼokumanya era nʼokutya Mukama Katonda.

Era ku lunaku olwo mulyogera nti, “Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe. Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze ebyʼettendo; muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna. Leekaana nʼeddoboozi eryʼomwanguka oyimbe nʼessanyu ggwe omuntu wʼomu Sayuuni, kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”

Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe, nʼamaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.

Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olwʼessanyu, batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba. Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama, mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, mu bizinga ebyʼennyanja.

Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange; ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo, kubanga okoze ebintu ebyʼettendo, ebintu bye wateekateeka edda, mu bwesigwa bwo. Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro, ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo, ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga, tekirizimbibwa nate. Abantu abʼamaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa nʼebibuga ebyʼamawanga agʼentiisa birikutya.

Weesigenga Mukama ennaku zonna, kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.

Mu biro ebyo Mukama Katonda owʼEggye aliba ngule ya kitiibwa, engule ennungi eyʼabantu be abaasigalawo.

Oluyimba luliba ngʼolwo lwoyimba mu kiro ngʼojaguza ku mbaga entukuvu; omutima gwo gulijaguza ngʼabantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri. Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye eryʼekitiibwa, alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.

Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe, ne galaba ensi eyeewala.

Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama yʼatuwa amateeka, Mukama ye Kabaka waffe, yʼalitulokola.

Nʼabantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba, nʼessanyu eritaggwaawo nga libajjudde. Balifuna essanyu lingi nnyo nʼokujaguza, okunakuwala nʼokusinda nga biggweereddewo ddala.

Mukama alindokola, kyetunaavanga tuyimba ne tukuba nʼebivuga ebyʼenkoba ennaku zonna ezʼobulamu bwaffe, mu nnyumba ya Mukama.

Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”

Ani eyali ageze amazzi gʼennyanja mu kibatu kye, nʼapima eggulu nʼoluta, nʼapima enfuufu yʼoku nsi mu kibbo, oba nʼapima ensozi ku minzaani, nʼobusozi ku kipima?

Temunnamanya, temunnawulira, temubuulirwanga okuva ku kutondebwa kwʼensi? Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu, era gyʼali abantu bali ngʼamayanzi. Atimba eggulu ngʼolutimbe era alibamba ngʼeweema eyʼokubeeramu. Afuula abafuzi obutaba kintu, afuula nʼabalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.

Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu. Ani eyatonda ebyo byonna? Oyo afulumya ebyaka ebyʼomu bbanga afulumya kina kimu, byonna nga bwe biri, nʼabiyita amannya gaabyo. Olwʼobukulu bwʼobuyinza bwe era kubanga wamaanyi ga nsusso, tewali na kimu kibulako.

Tonnamanya? Tonnawulira? Mukama, ye Katonda ataliggwaawo. Omutonzi wʼenkomerero yʼensi. Tazirika so takoowa era nʼamagezi ge tewali nʼomu ayinza kugapima.

Oliziwewa empewo nʼezifuumula, embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye. Era naawe olisanyukira mu Mukama, era mu Mutukuvu wa Isirayiri mwʼolyenyumiririza.”

“Nze Mukama, eryo lye linnya lyange, nʼekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala. Laba, ebyo bye nagamba nti biribaawo bituuse, kaakano mbabuulira ku bigenda okujja; mbibategeeza nga tebinnabaawo.” Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, ettendo lye okuva ku nkomerero yʼensi! Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu, mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu. Leka eddungu nʼebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo, ebyalo Kedali mwʼatuula. Leka abantu bʼe Seera bayimbe nʼessanyu. Leka baleekaanire waggulu ku ntikko zʼensozi. Leka Mukama bamuwe ekitiibwa era balangirire ettendo lye mu bizinga.

Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange, gwe natonda olwʼekitiibwa kyange, gwe nakola gwe natonda.”

“Muli bajulirwa bange,” bwʼayogera Mukama, “omuweereza wange gwe nalonda: mulyoke mummanye, munzikirize, mutegeere nga Nze wuuyo: Tewali Katonda eyansooka era teriba mulala alinzirira. Nze, Nze mwene, nze Mukama; okuggyako nze tewali Mulokozi.

Nze Mukama, Omutukuvu wammwe, Omutonzi wa Isirayiri, Kabaka wammwe.”

abantu be nnekolera balangirire ettendo lyange.

Bwʼati bwʼayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we, Mukama Katonda owʼEggye: “Nze wʼolubereberye era nze nkomererayo era tewali Katonda mulala we ndi.

Yimba nʼessanyu ggwe eggulu kubanga ekyo Mukama yakikoze. Muleekaane nʼessanyu mmwe abali wansi ku nsi. Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu. Mukama anunudde Yakobo era yeegulumiriza mu Isirayiri.”

Nze Mukama, tewali mulala. Tewali katonda mulala wabula nze. Ndikuwa amaanyi wadde nga tonzisaako mwoyo, balyoke bamanye nga okuva enjuba gyʼeva okutuuka gyegenda tewali mulala wabula nze. Nze Mukama, tewali mulala. Nze nteekawo ekitangaala nʼentonda ekizikiza. Nze ndeeta okukulaakulana nʼokubonaabona. Nze Mukama akola ebyo byonna.”

Kubanga bwʼatyo bwʼayogera Mukama eyatonda eggulu, ye Katonda eyabumba ensi nʼagikola. Ye yassaawo emisingi gyayo. Teyagitonda kubeera nkalu naye yagikola etuulwemu. Ye yagamba nti, Nze Mukama so tewali mulala.

“Mudde gye ndi, mulokoke, mmwe mwenna abali ku nkomerero zʼensi, kubanga nze Katonda so tewali mulala. Neerayiridde, ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima so tekiriggibwawo mu maaso gange. Buli vviivi lirifukamira, na buli lulimi lulirayira!

Mujjukire ebigambo ebyasooka ebyʼedda ennyo. Kubanga nze Katonda, teri mulala. Nze Katonda, teri ali nga nze; alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo. Okuva ku mirembe egyʼedda ennyo, nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo era ndituukiriza byonna bye nategeka.’

Omununuzi waffe Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye, ye Mutukuvu wa Isirayiri.

“Mpuliriza ggwe Yakobo. Isirayiri gwe nalonda. Nze Nzuuyo. Nze owʼolubereberye era nze owʼenkomerero. Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gwʼensi, era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu. Bwe mbiyita byombi bijja.”

Bwʼati bwʼayogera Mukama, Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri, eri oyo eyanyoomebwa nʼakyayibwa amawanga, eri omuweereza wʼabafuzi nti, “Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa, abalangira balikulaba ne bakuvuunamira. Kino kiribaawo ku lwa Mukama, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri, oyo akulonze.”

Yogerera waggulu nʼessanyu, era jjaguza ggwe ensi. Muyimbe mmwe ensozi! Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.

Wuliriza! Amaloboozi gʼabakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa. Bonna awamu bajaguza olwʼessanyu. Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba nʼamaaso gaabwe. Mubaguke okuyimba ennyimba ezʼessanyu mwenna, mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika. Kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi.

Kubanga Omutonzi wo ye balo, Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye. Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo, Katonda owʼensi yonna, bwʼayitibwa.

Kubanga mulifuluma nʼessanyu ne mugenda mirembe, ensozi nʼobusozi nabyo ne bitandika okuyimba nga bibalabye, nʼemiti gyonna ne gitendereza nʼessanyu.

Kubanga bwʼatyo bwʼayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe nʼemirembe, owʼerinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu nʼoyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gwʼabakkakkamu, era nʼogwʼabo ababoneredde.

Enjuba si yeenekumulisizanga emisana, oba omwezi okukumulisizanga ekiro. Kubanga Mukama yʼanaabeeranga ekitangaala kyo ekyʼemirembe nʼemirembe, era Katonda wo yʼanaabeeranga ekitiibwa kyo. Enjuba yo terigwa nate, nʼomwezi gwo tegulibula; Mukama yʼanaabeeranga ekitangaala kyo ekyʼemirembe nʼemirembe era ennaku zo ezʼokukungubanga zikome. Abantu bo babeere batuukirivu, ensi ebeere yaabwe emirembe nʼemirembe. Ekisimbe kye nnesimbira; omulimu gwʼemikono gyange, olwʼokulaga ekitiibwa kyange.

Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga, okubawa engule eyʼobubalagavu mu kifo kyʼevvu, nʼamafuta agʼessanyu mu kifo kyʼennaku. Ekyambalo kyʼokutendereza mu kifo kyʼomwoyo wʼokukeŋŋeentererwa balyoke bayitibwe mivule gyʼabutuukirivu, ebisimbe bya Mukama, balyoke baweebwe ekitiibwa.

eyatuma omukono gwe ogwʼekitiibwa ogwʼamaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo, eyayawulamu amazzi nga balaba, yeekolere erinnya eryʼemirembe nʼemirembe?

Ggwe Kitaffe, wadde nga Ibulayimu tatumanyi era nga Isirayiri tatutegeera, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe okuva edda nʼedda lye linnya lyo.

Ate ngʼera, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi, ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.

Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda, “Eggulu yʼentebe yange kwe nfugira nʼensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange, nnyumba ki gye mulinzimbira? Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?

“Kubanga nga eggulu eppya nʼensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olwʼamaanyi gange, bwʼayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe nʼerinnya lyammwe bwe birisigala. Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, nʼokuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bwʼayogera Mukama Katonda.

Temuntya?” bwʼayogera Mukama; “temunkankanira? Nateeka omusenyu okuba ensalo yʼennyanja, olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka; wadde ngʼamayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza, gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.

Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu, era Kabaka owʼemirembe gyonna. Bwʼasunguwala, ensi ekankana, amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.

Muyimbire Mukama Katonda. Mumuwe ettendo. Kubanga awonyezza obulamu bwʼomunaku mu mikono gyʼabo abakozi bʼebibi.

“Omuntu ayinza okwekweka mu bifo ebyʼekyama ne sisobola kumulaba?” bwʼayogera Mukama. “Sijjuza eggulu nʼensi?” bwʼayogera Mukama.

“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ngʼennyondo eyasaayasa olwazi?” bwʼayogera Mukama.

“Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya nʼomutima gwammwe gwonna.

‘Ayi Mukama Katonda, ggwe wakola eggulu nʼensi nʼamaanyi go amangi ennyo, nʼomukono gwo ogugoloddwa. Tewali kintu na kimu kikulema. Olaga okwagala kwo eri enkumi nʼenkumi ate oleeta ekibonerezo kyʼebibi bya bakitaabwe ku baana baabwe. Ayi Katonda owʼekitalo era owʼamaanyi, ayitibwa Mukama Katonda owʼEggye,

“Nze Mukama, Katonda wʼabantu bonna. Eriyo ekinnema?

amaloboozi agʼessanyu nʼokujaguza, nʼamaloboozi gʼomugole ne bba, nʼamaloboozi gaabo abaleeta ekiweebwayo ekyʼokwebaza eri ennyumba ya Mukama, nga bagamba nti, “Mumwebaze Mukama Katonda owʼEggye, kubanga Mukama mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Kubanga ndizzaawo omukisa gwʼeggwanga lino nga bwe gwali mu kusooka,’ bwʼayogera Mukama Katonda.

Golokoka, okaabe ekiro obudde nga bwa kaziba; Fuka emmeeme yo ngʼamazzi mu maaso ga Mukama. Yimusa emikono gyo gyʼali, olwʼobulamu bwʼabaana bo abato abazirise olwʼenjala mu buli luguudo.

Tuyimuse emitima gyaffe nʼemikono gyaffe eri Katonda mu ggulu, twogere nti,

Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna; entebe yo eyʼobwakabaka ya mirembe na mirembe.

Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kwʼebiwaawaatiro byabyo, ngʼokuwuuma kwʼamazzi amangi, ngʼeddoboozi lya Ayinzabyonna, ngʼoluyoogaano lwʼeggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo. Awo ne wawulikika eddoboozi okuva waggulu wʼekifo ekigazi waggulu wʼemitwe gyabyo, bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo. Waggulu wʼekifo ekigazi waggulu wʼemitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe eyʼobwakabaka, eya safiro, ate waggulu wʼekifaananyi ekyʼentebe eyʼobwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ngʼomuntu. Ekyo nakirabira ku kyafaanana ngʼekiwato kye, okwambuka ngʼafaanana ngʼekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; nʼokuva mu kiwato kye okukka ngʼafaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna. Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olwʼenkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi ekyʼekitiibwa kya Mukama. Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi lyʼoyo eyali ayogera.

Awo Omwoyo nʼansitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ngʼokuwuluguma okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe mu kifo gyʼabeera.”

Ne nsituka ne ndaga ku ttale. Ekitiibwa kya Mukama kyaliwo, nga kifaanana ekitiibwa kye nalaba ku Mugga Kebali; ne neeyala wansi.

Era awo we waali ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri, ngʼokwolesebwa kwe nalaba mu kyererezi.

Awo ekitiibwa kya Mukama ne kyambuka okuva waggulu wa bakerubi ne kidda mu mulyango gwa yeekaalu. Ekire ne kijjula mu yeekaalu, nʼoluggya ne lujjula okumasamasa okwʼekitiibwa kya Mukama. Nʼokuwuuma kwʼebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulikika wala mu luggya olwʼebweru, ngʼeddoboozi lya Mukama owʼEggye bwe liwulikika ngʼayogedde.

Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiva ku mulyango gwa yeekaalu ne kiyimirira waggulu wa bakerubi. Ne ndaba bakerubi nga bayanjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne basituka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga nazo ne zigendera ku mabbali gaabwe. Ne bayimirira awayingirirwa ku luggi olwʼebuvanjuba olwa yeekaalu ya Mukama, nʼekitiibwa kya Katonda owa Isirayiri nga kiri waggulu waabwe.

Awo bakerubi, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ngʼekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kibali waggulu. Ekitiibwa kya Mukama ne kiva wakati mu kibuga ne kiyimirira waggulu wʼolusozi oluli ku luuyi olwʼebuvanjuba wʼekibuga.

Olwo ndyolesa obukulu bwange nʼobutukuvu bwange, era ndyeraga eri amawanga mangi, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama Katonda.’ ”

ne ndaba ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri nga kiva Ebuvanjuba, nʼeddoboozi lye lyali ngʼokuwuuma okwʼamazzi amangi, nʼensi nʼemasamasa olwʼekitiibwa kye. Okwolesebwa kwe nalaba kwali nga kuli kwe nalaba bwe najja okuzikiriza ekibuga, era ngʼokwolesebwa kwe nalaba ku lubalama lwʼomugga Kebali; ne nvuunama. Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu yeekaalu nga kiyita mu luggi olwolekera Obuvanjuba, Omwoyo nʼansitula, nʼandeeta mu luggya olwʼomunda, nʼekitiibwa kya Mukama ne kijjula yeekaalu. Awo omusajja ngʼayimiridde okunninaana, ne mpulira omuntu ayogera nange ngʼasinziira munda mu yeekaalu; nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, kino kye kifo ekyʼentebe eyʼobwakabaka bwange, era ekifo ekyʼebigere byange mwe nnaabeeranga wakati mu bantu ba Isirayiri emirembe gyonna. Ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo kuvvoola linnya lyange ettukuvu, bo newaakubadde bakabaka baabwe, nga basinza emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu.

Awo omusajja nʼankulembera ne tuyita mu kkubo eryʼomulyango ogwʼObukiikakkono nʼantwala mu maaso ga yeekaalu. Ne ntunula ne ndaba ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde yeekaalu ya Mukama, ne nvuunama.

Mu kiro ekyo Danyeri nʼafuna okwolesebwa ku kigambo ekyo, nʼatendereza Katonda owʼeggulu. Nʼayogera nti, “Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe nʼemirembe, kubanga amagezi nʼobuyinza bibye. Ategeera ebiseera nʼebiro; assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka; awa amagezi abagezigezi, era nʼokumanyisa abo abategeevu. Abikkula ebyama ebyakisibwa edda; amanyi ebifa mu nzikiza, nʼekitangaala kibeera naye. Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange ompadde amagezi nʼamaanyi, ombikkulidde ekyo kye twakusabye, otutegeezezza ekirooto kya kabaka.”

“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda wʼeggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna.

Oluvannyuma lwʼebbanga eryo, nze, Nebukadduneeza, ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne gakomawo. Ne ntendereza Oyo Ali Waggulu Ennyo, ne muwa ekitiibwa ne mugulumiza oyo abeera omulamu emirembe nʼemirembe. Okufuga kwe tekuliggwaawo, nʼobwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.

Kale nze Nebukadduneeza kyennaava mmutendereza era ne mmuwa ekitiibwa ne mmugulumiza Kabaka owʼeggulu, kubanga emirimu gye gyonna gya mazima nʼamakubo ge ga nsonga, nʼabo abʼamalala abakkakkanya.

“Era nga nkyali awo ne ndaba, entebe ezʼobwakabaka nga ziteekeddwawo, nʼOwedda nʼEdda nʼatuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka. Ebyambalo bye byali byeru ngʼomuzira, nʼenviiri ezʼoku mutwe gwe nga njeru ngʼebyoya byʼendiga. Entebe ye eyʼobwakabaka yali eyakaayakana ngʼennimi zʼomuliro, ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro. Omugga gwʼomuliro nga gukulukuta, nga gukulukutira awo mu maaso ge. Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga, nʼemitwalo nʼemitwalo baayimiriranga mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kutandika, ebitabo ne bibikkulwa.

“Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ngʼomwana wʼomuntu, ngʼajja nʼebire ebyʼomu ggulu. Nʼajja okumpi nʼOwedda nʼEdda, nʼasembezebwa mu maaso ge. Nʼaweebwa obuyinza, nʼekitiibwa, nʼobwakabaka nʼamaanyi agava waggulu; abantu bonna, nʼamawanga gonna, nʼabantu abʼennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, nʼobwakabaka bwe tebulizikirizibwa.

Naye abatukuvu abʼOyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe nʼemirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’

Nʼoluvannyuma ekitiibwa, nʼobuyinza nʼobukulu obwʼobwakabaka obuli wansi wʼeggulu, buliweebwa abatukuvu bʼOyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, nʼamatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’

Aliyimirira nʼanyweera nʼaliisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu kitiibwa kyʼerinnya lya Mukama Katonda we. Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu okutuusa ku nkomerero yʼensi.

Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda, obusozi ne busaanuuka, ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge, ensi nʼekankana nʼabantu bonna abagirimu.

Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ngʼamazzi bwe ganjaala ku nnyanja.

Katonda yajja ngʼava e Temani, Omutukuvu oyo ngʼava ku lusozi Palani. Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu, ensi nʼeryoka ejjula ettendo lye. Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ngʼenjuba evaayo. Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe, era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge agʼekitalo.

Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola; Amataba ne gayitawo mbiro, obuziba bwʼennyanja ne buwuluguma, ne busitula amayengo gaayo waggulu.

Ndikankanya amawanga gonna, nʼamawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.

Nze ndiba bbugwe owʼomuliro, okukyebungulula enjuuyi zonna era nze ndiba ekitiibwa kyakyo mu kyo,’ bwʼayogera Mukama.

Awo nʼaddamu nʼaŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.

Oyo yʼalizimba yeekaalu ya Mukama, era alijjula ekitiibwa. Alituula ku ntebe ye eyʼobwakabaka, nʼafuga. Era yʼaliba Kabona ku ntebe ye eyʼobwakabaka; walibaawo okutegeeragana okwʼemirembe wakati wa Ttabi ne Yoswa.’

Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni: leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gyʼoli; mutuukirivu era muwanguzi; muwombeefu era yeebagadde endogoyi, endogoyi ento, omwana gwʼendogoyi.

Ku lunaku olwo ebigere bye biriyimirira ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde obuvanjuba bwa Yerusaalemi, era olusozi lwa Zeyituuni lulyabuluzibwamu ebitundu bibiri okuva Ebuvanjuba okudda Ebugwanjuba era lujjemu oguwonvu oguwanvu ennyo. Ekitundu ekimu ekyʼolusozi kidde mu Bukiikakkono ekirala mu Bukiikaddyo.

Mukama alibeera kabaka owʼensi zonna: ku lunaku olwo Mukama alibeera omu yekka nʼerinnya lye liribeera erinnya lyokka.

Abo abatya Mukama bayogeragana bokka ne bokka, Mukama nʼabawulira. Ekitabo ekyʼokujjukira abatya Mukama ne balowooza ku linnya lye, ne kiwandiikibwa ngʼalaba.

“Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa ‘Emmanweri,’ amakulu gaalyo nti, ‘Katonda ali naffe.’ ”

“Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka wʼAbayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.”

Bwe baayingira mu nnyumba ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, nʼobubaane nʼomugavu.

Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka nʼalaba Omwoyo wa Katonda ngʼamukkako mu kifaananyi kyʼejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.

Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti, Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya Lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. Byʼoyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.

Totuganya kukemebwa naye tulokole eri omubi.

Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, “Muntu ki ono, omuyaga nʼennyanja gwe biwulira?”

Naye mbagamba nti ekisinga Yeekaalu kiri wano.

Nʼabo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!”

Abantu bangi ne beewuunya, nga balaba ababadde batayogera nga boogera, nʼababadde bakoozimbye nga bawonye, nʼababadde abalema nga batambula, nʼababadde abazibe bʼamaaso nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.

Kubanga Omwana wʼOmuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ngʼebikolwa bye bwe byali.

Nʼafuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ngʼenjuba nʼebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana.

Bwe yali akyayogera ebyo ekire ekimasamasa ne kiva waggulu ne kibabuutikira eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala ennyo, era gwe nsanyukira ennyo. Mumuwulirenga.” Abayigirizwa bwe baakiwulira ne bagwa wansi ne beevuunika nga batidde nnyo.

Yesu nʼabatunuulira, nʼabaddamu nti, “Mu buntu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna.”

Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana wʼOmuntu bwʼalituula ku ntebe ye eyʼekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi nʼebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi nʼebibiri.

“Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti, ‘Laba Kabaka wammwe ajja gye muli nga muwombeefu, nga yeebagadde omwana gwʼendogoyi.’ ”

Ebibiina ebyamukulembera, nʼebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi! “Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama. “Ozaana waggulu ennyo!”

Naye bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka bwe baalaba ebyʼekitalo bye yakola, nʼabaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga. Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?” Yesu nʼabaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti, ‘Abaana abato nʼabawere abayonka balimutendereza!’ ”

Yesu nʼaddamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼobulamu bwo bwonna, nʼamagezi go gonna.’ Eryo lyʼetteeka eryʼolubereberye era lye Iisingira ddala obukulu.

“Oluvannyuma lwʼebyo akabonero kʼOmwana wʼomuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kwʼamawanga gonna agʼomu nsi, era baliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajja ku bire byʼeggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene. Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi eryʼomwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olwʼeggulu okutuuka ku ludda olulala.”

“Omwana wʼOmuntu bwʼalijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe eyʼekitiibwa kye. Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ngʼomusumba bwʼayawulamu endiga nʼembuzi.

Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

Yesu nʼaddamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana wʼOmuntu ngʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼakomawo ku bire ebyʼeggulu.”

Awo Yesu bwe yayimirira mu maaso ga gavana, Omuruumi, gavana nʼamubuuza nti, “Ggwe Kabaka wʼAbayudaaya?” Yesu nʼamuddamu nti, “Okyogedde.”

Ne bawanika ekipande waggulu wʼomutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti, “ONO YE YESU, KABAKA WʼABAYUDAAYA.”

Bwe baali bagenda, amangwago Yesu nʼayimirira mu maaso gaabwe! Nʼabalamusa nti, “Mirembe?” Ne bagwa wansi ne bavuunama mu maaso ge, ne bamukwata ku bigere ne bamusinza.

Ne bamusisinkana ne bamusinza. Naye abamu ku bo tebaakakasiza ddala nti ye Yesu, ne babuusabuusa! Awo Yesu nʼasemberera abayigirizwa be nʼabategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.

Ne batya nnyo, ne bagambagana nti, “Ono ye ani, embuyaga nʼennyanja gwe bigondera?”

Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, nʼebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana wʼOmuntu alimukwatirwa ensonyi bwʼalijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”

Awo ne walabika ekire, ne kibasaanikira ne muvaamu eddoboozi ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa. Mumuwulirirenga.”

Yesu nʼabatunuulira enkaliriza nʼabagamba nti, “Eri abantu tekisoboka nʼakatono. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”

Abaali mu maaso ge nʼabaali emabega we, bonna ne baleekaanira waggulu nti: “Ozaana!” “Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama!” “Atenderezebwe olwʼokukomyawo obwakabaka bwa jjajjaffe Dawudi nʼokubuwa omukisa!” “Ozaana! Ayi ali waggulu ennyo!”

Yesu nʼamuddamu nti, “Eryʼolubereberye lye lino nti ‘Wulira, Isirayiri! Mukama Katonda waffe, Mukama ali omu yekka. Era yagala Katonda wo nʼomutima gwo gwonna nʼomwoyo gwo gwonna, nʼamagezi go gonna, nʼamaanyi go gonna.’

“Olwo muliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajjira ku bire nʼamaanyi mangi nʼekitiibwa kinene,

Eggulu nʼensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe nʼemirembe.”

Awo ne bayimbayo oluyimba, ne balyoka bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

Yesu nʼaddamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana wʼOmuntu ngʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ngʼakomawo mu bire ebyʼeggulu.”

Piraato nʼabuuza Yesu nti, “Ggwe Kabaka wʼAbayudaaya?” Yesu nʼamuddamu nti, “Oyogedde.”

Ne batimba ekipande waggulu wʼomutwe gwa Yesu, okwawandiikibwa nti, “KABAKA WʼABAYUDAAYA.”

Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, nʼatwalibwa mu ggulu nʼatuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

Kubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu. Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana wʼOyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe eyʼobwakabaka eya jjajjaawe Dawudi. Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era nʼobwakabaka bwe tebulikoma.” Awo Maliyamu nʼabuuza malayika nti, “Ekyo kiriba kitya? Kubanga simanyi musajja.” Malayika nʼamuddamu nti, “Mwoyo Mutukuvu alikukkako, nʼamaanyi gʼOyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, nʼomwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda.

Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.”

Maliyamu nʼagamba nti, “Emmeeme yange etendereza Mukama. Nʼomwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,

Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu; Nʼerinnya lye ttukuvu.

mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ezʼobulamu bwaffe.”

Amangwago eggye lya bamalayika abʼomu ggulu ne beegatta ne malayika oyo ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali Waggulu ennyo. Nʼemirembe gibe mu nsi eri abantu Katonda bʼasiima.”

Awo abasumba ne baddayo gye balundira ebisibo byabwe, nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olwʼebyo byonna bye baawulira era ne bye baalaba nga bwe baali bategeezeddwa.

Naye Yesu nʼaddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gwʼoweerezanga yekka.’ ”

Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, nʼafukamira mu maaso ga Yesu nʼamugamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo.”

Nʼalyoka abagamba nti, “Okukkiriza kwammwe kuluwa?” Ne batya, ne beewuunya nnyo, ne bagambagana nti, “Omuntu ono ye ani? Alagira omuyaga nʼamazzi ne bimugondera!”

Buli alinkwatirwa ensonyi, nze nʼebigambo byange, nʼOmwana wʼOmuntu, alimukwatirwa ensonyi, bwʼalijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.

Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya ebyʼekitalo ebyo Yesu bye yali akola, nʼagamba abayigirizwa be nti,

Mu kiseera ekyo Yesu nʼajjula essanyu ku bwa Mwoyo Mutukuvu nʼagamba nti, “Nkutendereza Kitange, Mukama wʼeggulu nʼensi, kubanga wakweka ebintu bino abagezi nʼabayivu, naye nʼobibikkulira abaana abato. Weewaawo Kitange, bwʼotyo bwe wasiima.

Omunnyonnyozi wʼamateeka nʼaddamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼemmeeme yo yonna, nʼamaanyi go gonna, nʼamagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ ”

Nʼabagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti, ‘Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe, obwakabaka bwo bujje.

Omu ku bo bwe yalaba ngʼawonye nʼakomawo eri Yesu nga bwʼaleekaanira waggulu ngʼatendereza Katonda. Nʼagwa wansi ku bigere bya Yesu ngʼamwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.

Yesu nʼaddamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”

Amangwago nʼaddamu okulaba, nʼagoberera Yesu ngʼatendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.

Awo bwe yatuuka oluguudo we luserengetera olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna ekyʼabayigirizwa, ne batandika okutendereza Katonda, mu ddoboozi eryʼomwanguka olwʼebyamagero bye yali akoze nga boogera nti, “Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!” “Emirembe gibe mu ggulu, nʼekitiibwa kibeere waggulu ennyo!” Naye abamu ku Bafalisaayo abaali mu kibiina ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, lagira abayigirizwa bo basirike!” Yesu nʼabaddamu nti, “Mbategeeza nti Singa bo basirika, amayinja gano ganaaleekaana!”

Mu kiseera ekyo muliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajjira mu kire nʼobuyinza nʼekitiibwa kingi.

Eggulu nʼensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.

Naye ekiseera kituuse, Nze, Omwana wʼOmuntu, okutuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna.” Bonna ne baleekaana nti, “Kwe kugamba nti Ggwe Mwana wa Katonda?” Yesu nʼabaddamu nti, “Nga bwe mugambye bwe ntyo bwe ndi.”

Piraato kwe kubuuza Yesu nti, “Ggwe kabaka wʼAbayudaaya?” Yesu nʼamuddamu nti, “Ggwe okyogedde.”

Waggulu wʼomutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti, “ONO YE KABAKA WʼABAYUDAAYA.”

Nʼalyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bwʼolijja mu bwakabaka bwo.”

Ne bamusinza, ne baddayo mu Yerusaalemi nga bajjudde essanyu lingi. Ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo nga batendereza Katonda.

Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo.

Kigambo nʼafuuka omubiri, nʼabeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ngʼekyʼoyo omu yekka eyava eri kitaffe ngʼajjudde ekisa nʼamazima.

Nassanayiri nʼamuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”

Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.” “Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Owʼomu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi.

Yesu nʼamugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi. Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era nʼabo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Katonda Mwoyo nʼabo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.”

abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa.

Awo Yesu nʼayongera okwogera nʼekibiina, nʼagamba nti, “Nze Musana gwʼensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga nʼomusana ogwʼobulamu.”

Yesu nʼabaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.”

Omusajja nʼagamba nti, “Mukama wange, nzikiriza!” Nʼamusinza.

Nze ne Kitange tuli omu.”

Yesu nʼamuddamu nti, “Saakugambye nti Bwʼonokkiriza onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”

Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali bazze ku mbaga eyʼOkuyitako bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemi, ne bakwata amatabi gʼenkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti, “Ozaana.” “Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.” “Ye Kabaka wa Isirayiri.” Awo Yesu bwe yalaba endogoyi ento nʼagyebagala. Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Ggwe muwala wa Sayuuni totya; laba Kabaka wo ajja, nga yeebagadde omwana gwʼendogoyi.”

Yesu nʼabaddamu nti, “Ekiseera kituuse Omwana wʼOmuntu agulumizibwe.

Kitange gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ndigulumizizza era ndyongera okuligulumiza.”

Yuda olwafuluma, Yesu nʼagamba nti, “Kaakano Omwana wʼOmuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye. Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.

Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana.

Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.

Yesu bwe yamala okwogera ebyo nʼayimusa amaaso ge nʼatunula eri eggulu, nʼayogera nti, “Kitange ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, nʼomwana alyoke akugulumize, nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu owʼamazima, nʼoyo gwe watuma, Yesu Kristo. Nkugulumizizza ku nsi, omulimu gwe wantuma okukola, ngumalirizza. Kale kaakano, Kitange, ngulumiza wamu naawe mu kitiibwa ekyo kye nnali nakyo ngʼensi tennabeerawo.”

Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu nʼabaddamu nti, “Ye Nze,” Yuda, eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi.

Awo Piraato nʼaddayo mu lubiri nʼayita Yesu. Nʼamubuuza nti, “Ggwe Kabaka wʼAbayudaaya?”

Yesu nʼaddamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa bubadde bwa mu nsi eno abaweereza bange bandirwanye ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” Piraato nʼamubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?” Yesu nʼamuddamu nti, “Okyogedde nti ndi kabaka. Ekyo kye nnazaalirwa era kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Era abo bonna abaagala amazima bawulira eddoboozi lyange.”

Naye ku buli mbaga ejjuukirirwako Okuyitako mulina empisa, onkusaba mbateere omusibe omu. Kale mwagala mbateere Kabaka wʼAbayudaaya?”

Piraato nʼakola ekiwandiiko nʼakiteeka ku musaalaba, nga kisoma nti: “YESU Omunnazaaleesi, KABAKA WʼABAYUDAAYA.” Ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi nʼekibuga, era Abayudaaya bangi abaasoma ekiwandiiko ekyo kubanga kyali mu Lwebbulaniya, ne mu Lulatini ne Luyonaani. Awo bakabona abakulu abʼAbayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti, ‘Kabaka wʼAbayudaaya,’ naye nti, ‘Oyo eyeeyita Kabaka wʼAbayudaaya.’ ” Piraato nʼaddamu nti, “Ekyo kye mpandiise kye mpandiise.”

Tomasi nʼamuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”

Awo bwe yagulumizibwa nʼalaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, nʼaweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, nʼalyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko.

“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”

nʼabuuka nʼayimirira nʼatandika okutambula! Nʼayingira nabo mu Yeekaalu ngʼatambula era nga bwʼabuuka ngʼatendereza Katonda.

Oyo Katonda nʼamugulumiza okubeera Omulangira era Omulokozi, abeerenga ku mukono gwe ogwa ddyo, okuwa Isirayiri omukisa ogwʼokwenenya nʼokusonyiyibwa ebibi.

“Awo Mukama nʼagamba Musa nti, ‘Gyamu engatto zo, kubanga ekifo wʼoyimiridde kitukuvu.

Naye Suteefano ngʼajjudde Mwoyo Mutukuvu, nʼatunuulira eggulu enkaliriza, nʼalaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ngʼayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. Nʼabagamba nti, “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, nga nʼOmwana wʼOmuntu ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.”

Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ngʼababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna.

Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba nʼennyimba ezʼokutendereza Katonda, nga nʼabasibe abalala bawuliriza, amangwago ne wabaawo musisi owʼamaanyi ennyo. Emisingi gyʼekkomera ne ginyeenyezebwa, nʼenzigi zʼekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era nʼenjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri!

“Katonda oyo ye yakola ensi nʼebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama wʼeggulu nʼensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa nʼemikono gyʼabantu,

eyakakasibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi aga Mwoyo Mutukuvu olwʼokuzuukira kwʼabafu, ye Yesu Kristo Mukama waffe.

Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kwʼensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo nʼobwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu byʼobutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.

Balina bajjajjaabwe abamanyiddwa, Kristo be yasibukamu mu mubiri. Nsaba Katonda afuga byonna atenderezebwenga emirembe gyonna, Amiina.

Kale nga Katonda wa kitalo, ngʼamagezi ge mangi nʼokutegeera kwe kungi era nʼobugagga bungi; ensala ye eyʼemisango nga tekeberekeka, nʼamakubo ge tegekkaanyizika. “Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama? Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?”

Kubanga byonna biva gyʼali, era biyita mu ye era bidda gyʼali. Ekitiibwa kibe gyʼali emirembe gyonna. Amiina.

Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olwʼokusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okwʼomwoyo.

Kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bwʼayogera Mukama, ‘buli vviivi lirinfukaamirira era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ”

mu mwoyo gumu nʼeddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo. Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olwʼekitiibwa kya Katonda. Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza wʼabakomole olwʼamazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe nʼAbaamawanga balyoke bagulumize Katonda olwʼokusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Kyendiva nkutendereza mu Baamawanga, era ne ntendereza erinnya lyo.” Era nʼayongera nʼagamba nti: “Mmwe Abaamawanga musanyukirenga wamu nʼabantu be.” Era nate nti, “Abaamawanga mwenna, mutendereze Mukama, era abantu bonna bamutenderezenga.”

Kaakano eri oyo ayinza okubanyweza ngʼenjiri yange nʼokubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ngʼekyama kyʼokubikkulirwa ebyʼebiro ebyʼemirembe nʼemirembe ebyasirikirwa, bwe kiri, kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ngʼekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olwʼokugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa, Katonda omu yekka owʼamagezi, agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, emirembe nʼemirembe. Amiina.

Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.

Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.

Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda.

ebyama byʼomu mutima gwe bibikkulwe, alyoke afukamire asinze Katonda, nga bwʼagamba nti, “Ddala Katonda ali mu mmwe.”

Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala ekyʼokumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.

Kristo oyo eyeewaayo ku lwʼebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi ngʼokwagala kwa Katonda, era Kitaffe bwe kuli, aweebwe ekitiibwa emirembe nʼemirembe. Amiina.

Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogwʼomwoyo oguva mu ggulu.

Katonda tumutendereze olwʼekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gwʼayagala ennyo.

ffe Abayudaaya tulyoke tumuleetere okugulumizibwa, ffe abaasooka okuba nʼessuubi mu Kristo. Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo ekyʼEnjiri eyʼokulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa, gwe musingo gwʼobusika bwaffe, okutuusa bwʼalinunula abantu be, ne Katonda nʼagulumizibwa era nʼatenderezebwa.

ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe owʼekitiibwa, abawe Omwoyo owʼamagezi nʼokubikkulirwa mweyongere okumutegeera. Nnyongera okubasabira, amaaso gʼemitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi lyʼokuyitibwa kwammwe, nʼobugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu nʼabantu ba Katonda bonna. Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ngʼokukola kwʼobuyinza bwʼamaanyi ge bwe kuli, amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, nʼamutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu. Waggulu eyo, Kristo gyʼafugira obufuzi bwonna, nʼobuyinza bwonna, nʼamaanyi gonna, nʼobwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. Katonda atadde ebintu byonna wansi wʼebigere bye, nʼafuula Kristo omutwe gwʼebintu byonna ebyʼekkanisa, era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.

Nfukaamirira Kitaffe, ebika byonna ebyʼomu ggulu nʼebyʼoku nsi mwe biggya obulamu. Nsaba Katonda oyo akola ebyʼekitalo era agulumizibwa, agumyenga era anywezenga omuntu wammwe owʼomunda, olwʼOmwoyo we, Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olwʼokukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga nʼemirandira mu kwagala nga mukunywereddemu, mulyoke mubeerenga nʼamaanyi awamu nʼabatukuvu bonna, okusobola okutegeera obugazi, nʼobuwanvu, nʼobugulumivu nʼokukka wansi ebiri mu kwagala kwa Kristo. Njagala mutegeere okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke musobole okutegeerera ddala Katonda bwʼali. Kaakano nsaba nti Oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ngʼamaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe, agulumizibwenga mu Kkanisa ne mu Kristo Yesu, emirembe nʼemirembe. Amiina.

Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.

Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, nʼayisa waggulu wʼeggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bwʼensi yonna.

Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ezʼOmwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.

nga mujjudde ekibala ekyʼobutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olwʼokuweesa Katonda ekitiibwa nʼokumutendereza.

Katonda kyeyava amugulumiza, nʼamuwa erinnya erisinga amannya gonna; buli vviivi eryʼabo abali mu ggulu nʼabali ku nsi, era nʼabali wansi wʼensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ngʼOmwoyo bwʼatuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.

Katonda Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe nʼemirembe. Amiina.

Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika nʼebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba abʼobuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa. Ye gwe mutwe gwʼomubiri, nʼomubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna. Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye, era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gyʼali. Yaleetawo emirembe olwʼomusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye ebyʼensi nʼebyʼomu ggulu.

Katonda bwʼatyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obwʼekitiibwa kyʼekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era lyʼessuubi eryʼekitiibwa.

Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okwʼObwakabaka mwe kulabikira mu mubiri, era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gwʼobufuzi bwonna nʼobuyinza bwonna.

Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gyʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, kubanga mwafa era nʼobulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. Kristo atuwa obulamu, bwʼalirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye ebyʼomwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.

ge yabayitira ngʼayita mu Njiri yaffe mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.

Kabaka owʼolubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe nʼemirembe. Amiina.

kwʼaliraga mu ntuuko zaakwo, aweebwa omukisa era nnannyini buyinza yekka, Kabaka wa bakabaka bonna, era Mukama wa bakama, ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali nʼomu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, nʼobuyinza obutaggwaawo, Amiina.

Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe nʼemirembe. Amiina.

nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, nʼokulabika kwʼekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;

naye mu nnaku zino ezʼoluvannyuma yayogera naffe ngʼayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi nʼebintu byonna ebirimu. Amasamasa nʼekitiibwa kya Katonda, era kyʼekifaananyi kye ddala bwʼali, era abeezaawo buli kintu olwʼekigambo kyʼamaanyi ge. Bwe yamala okukola ekikolwa ekyʼokututukuza okuva mu bibi, nʼatuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obwʼomu ggulu.

Era nate bwʼaleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti, “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.” Era ayogera ku bamalayika nti, “Afuula bamalayika be ngʼempewo, nʼafuula nʼabaweereza be ngʼennimi zʼomuliro.” Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo eyʼObwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe nʼemirembe; obutuukirivu, gwe muggo ogwʼobwakabaka bwo.

Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olwʼekisa kya Katonda, yabonaabona nʼafa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, nʼatikkirwa engule eyʼekitiibwa nʼettendo.

Agamba nti, “Nditegeeza baganda bange erinnya lyo, era nnaakuyimbiranga ennyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.”

Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula. Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka nʼatakola kibi kyonna. Kale tusembererenga entebe ya Katonda eyʼobwakabaka eyʼekisa nʼobuvumu, tufune okusaasirwa nʼekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.

Noolwekyo Kabona Asinga Obukulu afaanana bwʼatyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko musango, wadde ebbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu,

Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogwʼentebe ya Katonda eyʼobwakabaka mu ggulu,

Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogwʼente ennume, naye yayingira mu Watukuvu wʼAwatukuvu omulundi gumu gwokka nʼomusaayi gwe; bwʼatyo ye yennyini nʼatufunira obulokozi obutaggwaawo.

naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka eyʼemirembe gyonna, olwʼebibi, nʼalyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu wʼAwatukuvu olwʼomusaayi gwa Yesu,

nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era yʼakutuukiriza, olwʼessanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ngʼanyooma ensonyi, nʼatuula ku luuyi olwa ddyo olwʼentebe ya Katonda.

Kale, nga bwe twaweebwa obwakabaka obutanyeenyezebwa, tusinze Katonda nga bwʼasiima nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya. Kubanga ddala, “Katonda waffe, gwe muliro ogwokya.”

Yesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bwʼali era bwʼaliba emirembe nʼemirembe.

Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka eyʼokutendereza Katonda, kye kirabo ekyʼemimwa, nga twatula erinnya lye.

Kale, Katonda owʼemirembe eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba wʼendiga omukulu owʼendagaano etaggwaawo gye yanyweza nʼomusaayi gwe, abawe buli kirungi kyonna kye mwetaaga okubasobozesa okukola byʼayagala, era atukozese ebisiimibwa mu maaso ge ngʼayita mu Yesu Kristo. Aweebwenga ekitiibwa emirembe nʼemirembe. Amiina.

Waliwo mu mmwe ali mu buzibu? Kirungi asabenga olwʼobuzibu obwo. Nʼabo abeetaaga okwebaza, kirungi bayimbirenga Mukama bulijjo ennyimba ezʼokumutendereza.

eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼafuga bamalayika nʼaboobuyinza, nʼabaamaanyi abʼomu ggulu.

Ayogera, ayogerenga ngʼatumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga nʼamaanyi gonna Katonda gʼamuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa nʼobuyinza emirembe nʼemirembe. Amiina.

Naye bwʼabonyaabonyezebwa olwʼokuba Omukristaayo aleme kukwatibwa nsonyi, wabula yeebazenga Katonda olwʼokuba owa Kristo.

Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ngʼayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza. Ekitiibwa nʼamaanyi bibeerenga gyʼali emirembe nʼemirembe. Amiina.

Kubanga tetwagoberera ngero bugero ezaagunjibwa wabula twabategeeza ebyo bye twalabirako ddala, ebyʼamaanyi nʼokukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era nʼobukulu bwe. Kubanga Katonda Kitaffe yamuwa ekitiibwa nʼettendo, eddoboozi bwe lyawulikika okuva mu ggulu mu kitiibwa ekingi ekimasamasa nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano nʼemirembe gyonna. Amiina.

Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olwʼamaanyi ge nʼobuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.

era nʼokuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era yʼafuga bakabaka abʼomu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe nʼomusaayi gwe, nʼatufuula obwakabaka bwʼobwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa nʼobuyinza bibeerenga eri oyo emirembe nʼemirembe. Amiina. Laba, ajja nʼebire, na buli liiso lirimulaba, nʼabaamufumita balimulaba, era nʼamawanga gonna ku nsi galimukungubagira. Weewaawo. Amiina!

“Nze Alufa ne Omega,” bwʼayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”

Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo byʼettaala ebya zaabu musanvu. Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu “eyali ngʼOmwana wʼOmuntu” eyali ayambadde ekyambalo ekiwanvu ekikoma ku bigere, nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu. Omutwe gwe nʼenviiri ze byali byeru ngʼebyoya byʼendiga ebyeru, era nga bifaanana ngʼomuzira, nʼamaaso ge nga gali ngʼennimi zʼomuliro. Ebigere bye byali ngʼekikomo ekizigule ekyakaayakana mu muliro nʼeddoboozi lye nga liyira ngʼamazzi amangi. Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ngʼalina ekitala ekyogi ekyʼobwogi obubiri mu kamwa ke; nʼekyenyi kye nga kiri ngʼenjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo. Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ngʼafudde, kyokka ye nʼanteekako omukono gwe ogwa ddyo nʼaŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero, era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo ebyʼokufa nʼamagombe.

Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe eyʼobwakabaka ngʼetegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko. Eyali agituddeko yali ayakaayakana ngʼamayinja agʼomuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ngʼentebe eyo yeetooloddwa musoke ngʼayakaayakana nga zumaliidi. Entebe eyʼobwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe.

Mu ntebe eyo eyʼobwakabaka ne muvaamu okumyansa nʼamaloboozi nʼokubwatuka. Mu maaso gʼentebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gyʼemyoyo omusanvu egya Katonda. Ne mu maaso gʼentebe eyo waaliwo ekiri ngʼennyanja eyʼendabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi nʼemabega waabyo nga biri wakati wʼentebe eyʼobwakabaka nʼokugyetooloola.

Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana nʼekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti, “Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna, Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.” Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa nʼettendo nʼokwebaza, Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso gʼOyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, omulamu emirembe nʼemirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso gʼentebe eyo, nga bwe bagamba nti, “Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa nʼettendo nʼobuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”

Awo omu ku bakadde abiri mu abana nʼaŋŋamba nti, “Lekeraawo okukaaba, kubanga, laba, empologoma eyʼomu kika kya Yuda, owʼomu lulyo lwa Dawudi, yawangula, era yʼayinza okukutula obubonero omusanvu obwʼenvumbo nʼokuzingulula omuzingo gwʼekitabo.” Ne ndaba nga ali ngʼOmwana gwʼEndiga ngʼattiddwa ngʼayimiridde wakati wʼentebe eyʼobwakabaka nʼebiramu ebina, ne wakati wʼabakadde, ngʼalina amayembe musanvu nʼamaaso musanvu, gyʼemyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu ekyʼensi. Nʼasembera nʼaggya omuzingo gwʼekitabo mu mukono ogwa ddyo ogwʼOyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka. Bwe yagukwata, ebiramu ebina nʼabakadde amakumi abiri mu abana, ne bagwa mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga ne bavuunama, buli omu ngʼalina ennanga era ngʼakutte ekibya ekya zaabu, ekyali kijjudde obubaane obwakaloosa nga butegeeza okusaba kwʼabantu abatukuvu. Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti, “Ggwʼosaanidde okutoola omuzingo gwʼekitabo, nʼokusumulula ebigusibye nʼokuguzingulula, kubanga wattibwa, omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika, na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi. Nʼobafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda okumuweerezanga, era be balifuga ensi.”

Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi nʼenkumi, nʼenkuyanja nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka awamu nʼebiramu biri nʼabakadde bali. Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omwana gwʼEndiga eyattibwa, asaanidde okuweebwa obuyinza, nʼobugagga, nʼamagezi nʼamaanyi, nʼekitiibwa, nʼettendo nʼokwebazibwa!” Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi wʼensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, nʼettendo, nʼekitiibwa, nʼamaanyi byʼOyo atudde ku ntebe yʼobwakabaka awamu nʼOmwana gwʼEndiga, emirembe nʼemirembe.” Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” Nʼabakadde ne bavuunama ne bamusinza.

Oluvannyuma lwʼebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kyʼabantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina nʼenkindu mu ngalo zaabwe. Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nga bagamba nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe eyʼobwakabaka era bwa Mwana gwʼEndiga.” Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka nʼabakadde era nʼebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ngʼebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda. Ne bayimba nti, “Amiina! Okutenderezebwa, nʼekitiibwa, nʼamagezi, nʼokwebazibwa, nʼettendo, nʼobuyinza, nʼamaanyi, bibe eri Katonda waffe emirembe nʼemirembe. Amiina!”

Kyebavudde babeera wano mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka eya Katonda nga bamusinza emisana nʼekiro mu Yeekaalu ye. Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, anaaberanga nabo ngʼabalabirira.

Awo malayika owʼomusanvu nʼafuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti, “Obwakabaka bwʼensi eno kati bufuuse bwa Mukama waffe ne Kristo we, era anaafuganga emirembe nʼemirembe.” Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza nga bagamba nti, “Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna, ggwe aliwo kati era eyaliwo, kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo, Era ofuga.”

Ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka mu ggulu nga ligamba nti, “Kaakano obulokozi bwa Katonda, nʼamaanyi ge nʼobwakabaka bwa Katonda waffe awamu nʼobuyinza bwa Kristo we bizze. Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe, eri Katonda waffe emisana nʼekiro, agobeddwa mu ggulu.

Ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga liyira ngʼekiyiriro ekyʼamazzi amangi nʼokubwatuka kwʼeggulu kwali kwʼamaanyi nnyo. Eddoboozi eryo lyali ngʼokuyimba okwʼabayimbi nga bakuba nʼennanga zaabwe. Ne bayimba oluyimba olwali ngʼoluyimba oluggya olulungi ennyo mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka eya Katonda ne mu maaso gʼebiramu ebina nʼabakadde. Ne wataba muntu nʼomu eyasobola okuyiga oluyimba olwo okuggyako abo emitwalo ekkumi nʼena mu enkumi ennya, abaanunulibwa okuva mu nsi. Abo be bantu abateeyonoonesanga eri abakazi; be bagoberera Omwana gwʼEndiga buli gyʼalaga. Baanunulibwa mu bantu abʼomu nsi ne beewaayo ngʼebibala ebibereberye eri Katonda nʼeri Omwana gwʼEndiga. Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa.

Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja, nʼensulo zʼamazzi zonna.”

Ne ndaba, era laba, ekire ekyeru era nga kiriko akituddeko eyali afaanana ngʼOmwana wʼOmuntu eyalina engule eya zaabu ku mutwe gwe era ngʼakutte ekiwabyo ekyogi mu mukono gwe.

Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, nʼoluyimba lwʼOmwana gwʼEndiga nga lugamba nti, “Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna. Amakubo go matukuvu era ga mazima, ayi ggwe Kabaka wa mawanga. Ani ataakutye Ayi Mukama, nʼatagulumiza linnya lyo? Ggwe wekka gwe Mutukuvu, amawanga gonna galijja ne gasinziza mu maaso go, Kubanga ebikolwa byo ebyʼobutuukirivu birabise.”

Awo Yeekaalu nʼejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda nʼemu maanyi ge, so tewaali muntu nʼomu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.

Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gwʼEndiga, kyokka Omwana gwʼEndiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.”

Oluvannyuma lwʼebyo ne mpulira oluyoogaano lwʼabantu abangi mu ggulu nga bagamba nti, “Aleruuya! Obulokozi nʼekitiibwa nʼamaanyi bya Katonda waffe.

Awo ebiramu ebina nʼabakadde amakumi abiri mu abana ne basinza Katonda eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, nga bagamba nti, “Amiina. Aleruuya.” Awo eddoboozi ne liva mu ntebe eyʼobwakabaka nga ligamba nti: “Mumutendereze Katonda waffe, mmwe abaddu be mwenna abamutya abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa.” Ate ne mpulira oluyoogaano lwʼabantu abangi olwawulikika ngʼamayengo agʼennyanja ennene, oba ngʼeddoboozi eryʼokubwatuka, ne boogera nti, “Aleruuya, kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna yʼafuga. Ka tusanyuke, tujaguze, era tumugulumize, kubanga ekiseera kituuse ekyʼembaga eyʼobugole eyʼOmwana gwʼEndiga, era nʼomugole we yeeteeseteese.

Amaaso ge gaali ngʼolulimi lwʼomuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ngʼalina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga yʼalimanyi. Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ngʼerinnya lye ye Kigambo wa Katonda. Abʼeggye eryʼomu ggulu abaali bambadde engoye eza linena omulungi ennyo enjeru, nabo ne bamugoberera nga beebagadde embalaasi enjeru. Mu kamwa ke mwavaamu ekitala ekyʼobwogi ekyʼokutemesa amawanga. “Alibafuga nʼomuggo ogwʼekyuma.” Alirinnya ku ssogolero lyʼomwenge ogwʼobusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna.

Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti: “KABAKA WA BAKABAKA ERA MUKAMA WA BAKAMA.”

Awo ne ndaba entebe eyʼobwakabaka enjeru nʼOyo eyali agituddeko. Ensi nʼebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. Ne ndaba abafu abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, nʼekitabo ekirala kyʼekitabo ekyʼobulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ngʼebikolwa bye bwe byali.

Awo ne ndaba eggulu eriggya nʼensi empya. Eggulu eryasooka nʼensi eyasooka byali biweddewo nga nʼennyanja tekyaliwo. Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ngʼomugole bwʼabeera ku mbaga eyʼobugole bwe, ngʼayonjereddwa bbaawe. Ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka nga lyogera okuva mu ntebe eyʼobwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe.

Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu nʼOmwana gwʼEndiga, bo ye yeekaalu yaakyo. Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gwʼEndiga ye ttaala yaakyo.

Awo malayika nʼandaga omugga ogwʼamazzi agʼobulamu agamasamasa ngʼendabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe eyʼobwakabaka eya Katonda, nʼeyʼOmwana gwʼEndiga, nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ezʼomugga kwaliko emiti egyʼobulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi nʼebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala ebyʼengeri endala; nʼamakoola gaagwo nga gakozesebwa ngʼeddagala okuwonya amawanga. Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe eyʼobwakabaka eya Katonda nʼeyʼOmwana gwʼEndiga ziribeera eyo, nʼabaddu be balimuweereza, era banaalabanga amaaso ge, nʼerinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe.

Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net