31 – Okubuulira Enjiri

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Okubuulira Enjiri.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere byʼabo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.”

Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa. Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola?

Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu, eyʼoku bigere byammwe. Ddala ddala mbagamba nti Ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olwo ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 307 ebitundu

Ensi ngʼekyaliwo, okusiga nʼamakungula, obunnyogovu nʼebbugumu, ebiseera ebyʼomusana nʼebyʼobutiti, emisana nʼekiro, tebiggwengawo.”

Musa nʼaddamu nti, “Tebagenda kunzikiriza, wadde okuwuliriza ebyo bye mbagamba: kubanga bagenda kwogera nti, Mukama takulabikiranga.”

Awo Musa nʼagamba Mukama nti, “Ayi Mukama wange, siri mwogezi mulungi okuva edda nʼedda, wadde ne mu kiseera kino ggwe kaayogerera nange, omuddu wo; njogera nnembeggerera ate nga bwe nnaanaagira.” Mukama nʼamuddamu nti, “Ani yakola akamwa kʼomuntu? Ani yatonda bakasiru, ne bakiggala, nʼabatunula, ne bamuzibe? Si nze, Mukama?” “Kaakano, genda! Nnaakuyambanga ngʼoyogera, era nnaakuyigirizanga byʼonooyogeranga.”

Naye Musa nʼagamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde tuma omuntu omulala.” Mukama nʼasunguwalira nnyo Musa, nʼamugamba nti, “Muganda wo Alooni Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga mwogezi mulungi; era, laba, ajja gyʼoli, era bwʼanaakulabako ajja kusanyuka mu mutima gwe. Ggwe ojja kwogeranga naye, nze nnaakutegeezanga kyʼonoomugambanga, nange nʼabayambanga mwembi, ne mbayigiriza ekyʼokukola. Yʼanaakwogereranga eri abantu, ngʼabategeeza bye wandiyogedde; ggwe nʼoba nga Katonda gyʼali, ngʼomutegeezanga byʼanaayogeranga.

Nga bwe nasuubiza Musa, buli we munaalinnyanga ekigere, mbawaddewo.

Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna; mulangirire obulokozi bwe buli lunaku. Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga, nʼebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.

Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene. Sisirika busirisi, nga naawe bwʼomanyi, Ayi Mukama. Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange, naye ntegeeza ku bwesigwa bwo nʼobulokozi bwo. Abantu nga bakuŋŋaanye, sirema kubategeeza ku mazima go nʼokwagala kwo okungi.

Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo ebyʼobutuukirivu obudde okuziba; nnaayogeranga ku bulokozi bwo, wadde siyinza kubupima. Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda, era ne ntegeezanga nti Ggwe wekka ggwe mutuukirivu. Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange; nʼokutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo ebyʼekitalo. Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze nʼenvi, tonjabuliranga, Ayi Katonda, okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi, nʼokumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.

Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye, mulangirire obulokozi bwe buli lukya. Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna, ebyʼamagero bye mubimanyise abantu bonna.

Era nnaayogeranga ku biragiro byo mu maaso ga bakabaka, nga sikwatibwa nsonyi.

Abo abasiga nga bakaaba amaziga, baliyimba ennyimba ezʼessanyu nga bakungula. Oyo agenda ngʼakaaba ngʼatwala ensigo okusiga; alikomawo ngʼayimba ennyimba ezʼessanyu ngʼaleeta ebinywa bye.

Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange, era bwe njogera onkomeko.

Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo, era gunaatendanga emirimu gyo egyʼamaanyi.

Omukozi wʼebibi afuna empeera eyʼobukuusa, naye oyo asiga ebyʼobutuukirivu akungula empeera eya nnama ddala.

Ekibala kyʼomutuukirivu muti gwa bulamu, era nʼoyo asikiriza emyoyo gyʼabantu ne balokoka wa magezi.

Amaaso agajjudde essanyu gasanyusa omutima, nʼamawulire amalungi galeetera amagumba obulamu. Oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa okuleeta obulamu, alituula wamu nʼabagezi. Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka, naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera. Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi, nʼobwetoowaze kye kitiibwa kyʼomuntu oyo.

Ebigambo ebirungi biri ngʼebisenge byʼomubisi gwʼenjuki, biwoomera emmeeme, ne biwonya nʼamagumba.

Omuntu omwegendereza mu bigambo bye abeera nʼokutegeera, nʼoyo alina omwoyo omuteefu aba muntu wa magezi. Omusirusiru bwʼasirika alowoozebwa okuba nʼamugezi, era aba mutegeevu bwʼafuga akamwa ke.

Omusirusiru tasanyukira kutegeera, kyʼasanyukira kyokka kwe kwogera byʼalowooza.

Akamwa kʼomusirusiru kamuleetera entalo era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo. Akamwa kʼomusirusiru ke kamuleetera okuzikirira, era nʼemimwa gye mutego eri emmeeme ye.

Oyo addamu amangu mu nsonga gyʼateetegerezza, buba busirusiru bwe era buswavu.

Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta, era nʼabo abalwagala balirya ebibala byalwo.

Ngʼamazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta, bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi eyʼewala.

nʼekiseera ekyʼokuyulizaamu nʼekiseera ekyʼokuddabiririzaamu; ekiseera ekyʼokusirikiramu nʼekiseera ekyʼokwogereramu;

Oyo alabirira embuyaga talisiga; nʼoyo atunuulira ebire talikungula.

Ku makya siga ensigo zo, nʼakawungeezi toddiriza mukono gwo; kubanga tomanyi eziryala, zino oba ziri, oba zombi ziriba nnungi.

Omubuulizi teyali mugezi kyokka, wabula yayigiriza nʼabantu ebyʼamagezi. Yalowooza nʼanoonyereza nʼayiiyaayo engero nnyingi. Omubuulizi yanoonyereza nʼafuna ebigambo ebituufu byennyini, ne bye yawandiika byali byesimbu era nga bya mazima.

Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ngʼabuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?” Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!”

Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti, ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga, nʼokulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’ Okakanyaze omutima gwʼabantu bano, oggale amatu gaabwe, nʼamaaso gazibe si kulwa nga balaba nʼamaaso gaabwe oba okuwulira nʼamatu gaabwe oba okutegeera nʼemitima gyabwe ne bakyuka bawonyezebwe.” Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?” Nanziramu nti, “Okutuusa ebibuga lwe birizika nga tewali abibeeramu, ne mu mayumba nga temuli muntu, ensi ngʼesigalidde awo,

Tudde eri amateeka nʼobujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.

Tewalibeera kukolaganako bulabe wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu. Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda, ngʼamazzi bwe gajjuza ennyanja.

Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, werinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo nʼamaanyi, liyimuse oyogere, totya. Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”

Nga birungi ku nsozi ebigere byʼoyo aleeta amawulire amalungi, alangirira emirembe, aleeta ebigambo ebirungi, alangirira obulokozi, agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”

Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu nʼabali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, nʼabasibe bateebwe bave mu makomera. Okulangirira omwaka gwa Mukama ogwʼokulabiramu obulungi bwe; olunaku lwa Mukama olwʼokuwalanirako eggwanga era nʼokuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga. Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga, okubawa engule eyʼobubalagavu mu kifo kyʼevvu, nʼamafuta agʼessanyu mu kifo kyʼennaku. Ekyambalo kyʼokutendereza mu kifo kyʼomwoyo wʼokukeŋŋeentererwa balyoke bayitibwe mivule gyʼabutuukirivu, ebisimbe bya Mukama, balyoke baweebwe ekitiibwa.

Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.” Naye Mukama Katonda nʼaŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gyʼonoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga byʼonooyogeranga. Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bwʼayogera Mukama Katonda. Awo Mukama Katonda nʼagolola omukono gwe, nʼakwata ku mimwa gyange, nʼaŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo byʼonooyogeranga.

“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bwʼayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ngʼekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi.

Awo nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, lya ekiri mu maaso go, lya omuzingo gwʼempapula guno; oluvannyuma ogende oyogere eri ennyumba ya Isirayiri.” Ne njasama, nʼampa omuzingo gwʼempapula ne ngulya. Nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, lya omuzingo gwʼempapula gwe nkuwa, ojjuze olubuto lwo.” Ne ngulya, ne guwoomerera ngʼomubisi gwʼenjuki. Oluvannyuma nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, kaakano laga eri ennyumba ya Isirayiri oyogere ebigambo byange gye bali.

Abo abalina okutegeera balyakaayakana ngʼokumasamasa kwʼomu bbanga; nʼabo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ngʼemmunyeenye emirembe nʼemirembe.

Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yona omulundi ogwokubiri, nʼamugamba nti, “Genda mu kibuga ekinene Nineeve obalabule nʼobubaka buno bwe nkuwa.”

Ku lunaku olwasooka Yona yatambula olunaku lwonna ngʼagenda alangirira nti, “Bwe waliyitawo ennaku amakumi ana, Nineeve kirizikirira.” Abantu bʼomu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi. Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka wʼe Nineeve, nʼayimuka ku ntebe ye eyʼobwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, nʼatuula mu nfuufu. Kabaka teyakoma awo, wabula nʼayisa nʼetteeka nʼalibunya Nineeve yonna nga ligamba nti, Olwʼekiragiro kya kabaka nʼabakungu be: “Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana nʼekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi; naye buli muntu nʼekisibo bibikkibwe nʼebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona nʼokukola ebyʼobukambwe. Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira nʼakkakkanya obusungu bwe nʼatatuzikiriza.” Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka nʼebibi byabwe, nʼabasonyiwa nʼatabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.

Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba, ebigere ebirungi ebyʼoyo aleese amawulire amalungi, alangirira emirembe. Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu, era otuukirize obweyamo bwo; omubi kaakano takyakulumba, azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.

Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza nʼajja ngʼabuulira mu ddungu lyʼe Buyudaaya ngʼagamba nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obwʼomu ggulu bunaatera okutuuka.”

Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi nʼAbasaddukaayo nga bajja okubatizibwa nʼabagamba nti, “Mmwe, abaana bʼessalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza.

Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”

Okuva mu kiseera ekyo Yesu nʼatandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obwʼomu ggulu busembedde.”

Awo Yesu, nʼabagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi bʼabantu.” Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera. Bwe yeeyongerayo katono, nʼasanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo nʼabayita bamugoberere. Amangwago, ne baleka awo kitaabwe mu lyato ne bagenda naye.

Yesu nʼabuna wonna mu Ggaliraaya ngʼayigiriza mu makuŋŋaaniro gʼAbayudaaya ngʼabuulira Enjiri eyʼobwakabaka obwʼomu ggulu, era ngʼawonya buli ndwadde yonna nʼobuyongobevu bwonna mu bantu.

“Mulina omukisa mmwe, bwe banaabavumanga, ne babayigganya, ne baboogerako ebibi ebya buli ngeri, ne babawaayiriza, nga babalanga nze. Musanyuke era mujaguze kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, ne bannabbi abʼedda bwe baayigganyizibwa bwe batyo.” “Mmwe muli munnyo gwa nsi. Naye kale bwe guggwaamu obuka, guliba munnyo nate? Olwo gukasukibwa ebweru ne gulinnyirirwa nʼebigere, nga tegukyalina mugaso gwonna.

“Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga tekikwekebwa ku lusozi. Era omuntu takoleeza ttabaaza ate nʼagisaanikirako ekisero, wabula agiteeka ku kikondo nʼemulisiza bonna abali mu nju. Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.

“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje nʼobutalagge, nʼababbi kwe bayinza okubibbira. Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, nʼababbi gye batayinza kuyingira kububba. Kubanga obugagga bwo gye bubeera nʼomutima gwo gye gubeera.”

Omuyigirizwa we omu nʼamugamba nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okuziika kitange.” Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Ngoberera! Leka abo abafu baziike abafu baabwe.”

Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo nʼalaba omuntu, erinnya lye Matayo, ngʼatudde mu kifo we basolooleza omusolo, nʼamugamba nti, “Ngoberera.” Bwʼatyo naye nʼasitukiramu nʼagoberera Yesu.

Yesu nʼagenda ngʼayita mu bibuga byonna ebyʼomu kitundu ekyo, ne mu byalo ngʼayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ngʼabuulira Enjiri eyʼobwakabaka. Era buli we yatuukanga nʼawonya abalwadde nʼabakoozimbye bonna.

Nʼagamba abayigirizwa be nti, “Ebyʼokukungula bingi nnyo, naye abakozi abakungula batono. Noolwekyo musabe nannyini nnimiro aweereze abakunguzi mu nnimiro ye.”

Mugende mubabuulire nti Obwakabaka obwʼomu ggulu busembedde. Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.

Temubanga na zaabu oba ffeeza wadde ekikomo mu nkoba zammwe, wadde ensawo eyʼoku mugongo, wadde essaati ebbiri, wadde omugogo gwʼengatto omulala, wadde omuggo. Kubanga omukozi asaanira okuweebwa ebyʼokumuyamba. “Buli kibuga oba kyalo mwe mutuukanga, munoonyengamu amaka gʼomuntu asaanidde, musulenga omwo okutuusa lwe mulivaayo. Bwe muyingiranga mu nnyumba mubeeyanjulire, amaka ago mugalagenga okwagala kwammwe. Amaka ago bwe gabanga agʼabantu abasaanidde, emirembe gyammwe gibe ku bo, naye bwe gatabanga bwe gatyo emirembe gyammwe gibaddirenga.

Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu, eyʼoku bigere byammwe. Ddala ddala mbagamba nti Ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olwo ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago.

Laba mbatuma ngʼendiga mu misege emingi. Noolwekyo mubeere bagezigezi ngʼemisota, era abataliiko kya kunenyezebwa ngʼamayiba. “Mwekuume abantu! Kubanga balibawaayo eri enkiiko zʼAbakadde, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe, ne babakuba emigo. Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, okuba abajulirwa eri bo nʼabannaggwanga.

Bwe muweebwangayo, temweraliikiriranga kye munaawoza, kubanga kinaabaweebwanga mu kiseera ekyo. Kubanga si mmwe mugenda okwogera wabula Omwoyo wa Kitammwe yʼalyogerera mu mmwe!

“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa era nʼabazadde baliwaayo abaana baabwe okuttibwa. Abaana nabo balyefuukira bazadde baabwe ne babatta. Mulikyayibwa abantu bonna olwʼerinnya lyange. Naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero alirokolebwa. Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu muddukirenga mu kirala! Ddala ddala mbagamba nti muliba temunnabuna bibuga bya Isirayiri, Omwana wʼOmuntu nʼajja.

“Buli muntu alinjatulira mu maaso gʼabantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. Na buli muntu alinneegaanira mu maaso gʼabantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

“Temulowooza nti Najja okuleeta emirembe ku nsi! Sajja kuleeta mirembe wabula ekitala. Kubanga najja okwawukanya omwana owoobulenzi ne kitaawe, nʼomwana owoobuwala ne nnyina nʼokwawukanya muka mwana ne nnyazaala we. Abalabe bʼomuntu banaabanga ba mu nju ye. “Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga Nze tansaanira, nʼoyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga Nze naye tansaanira. Nʼoyo ateetikkenga musaalaba gwe nʼangoberera tansaanira. Omuntu ayagala ennyo obulamu bwe alibufiirwa, naye alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola. “Buli abasembeza, aba asembezezza Nze, ate asembeza Nze aba asembezezza oyo eyantuma.

Awo Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi nʼababiri nʼavaayo nʼagenda okubuulira nʼokuyigiriza mu bibuga byabwe.

Abazibe bʼamaaso balaba, nʼabalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, nʼabafu bazuukizibwa nʼabaavu babuulirwa Enjiri. Era mumumpeere obubaka buno nti, ‘Balina omukisa abo abatambuusabuusa.’ ”

Era okuva mu biro bya Yokaana Omubatiza nʼokutuusa kaakano, obwakabaka obwʼomu ggulu buyingirwa nʼamaanyi, era abantu abʼamaanyi ennyo be babutwala.

Abantu bʼe Nineeve bwe baliyimirira mu musango bagenda kusinzisa abantu bʼomulembe guno omusango, kubanga Yona bwe yababuulira bo ne beenenya. Naye laba asinga Yona ali wano.

Nʼababuulira ebintu bingi mu ngero ngʼagamba nti, “Omulimi yali asiga ensigo mu nnimiro ye. Bwe yagenda ngʼamansa ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali gʼekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. Endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi era ne zimera mangu kubanga ettaka teryali ggwanvu. Naye omusana bwe gwayaka ne ziwotoka kubanga emirandira gyazo gyali kumpi. Endala ne zigwa mu maggwa, bwe zaamera amaggwa nago ne gakula ne gazisinga amaanyi, obulimi obwali bwakamera ne bukala. Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera ne zibala bulungi, ne zivaamu emirundi amakumi asatu, nʼendala emirundi nkaaga nʼendala emirundi kikumi.

“Noolwekyo muwulirize olugero Lwʼomulimi eyasiga ensigo. Ensigo eyagwa ku mabbali gʼekkubo efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo kya Katonda nʼatakitegeera era omulabe Setaani nʼajja nʼakimusikulako okuva ku mutima. Ensigo eyagwa ku lwaziyazi efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo amangwago nʼakyaniriza nʼessanyu, naye olwʼokuba nga talina mmizi mu ye, wa kaseera buseera, ennaku nʼokuyigganyizibwa bwe bijja olwʼekigambo, amangwago nʼagwa. Nʼensigo eyagwa mu maggwa efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kwʼebintu byʼensi nʼobugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala. Naye ensigo eyagwa ku ttaka eddungi efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo nʼakitegeera, nʼabalira ddala ebibala, nʼabala ebibala amakumi asatu, oba nkaaga oba kikumi.”

Nʼabagerera olugero olulala ngʼagamba nti, “Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼakaweke ka kaladaali, omusajja ke yasiga mu nnimiro. Kaladaali kaweke katono nnyo okusinga ensigo endala zonna. Naye bwe kasimbibwa ne kakula kavaamu omuti omunene ennyo, nʼennyonyi ezʼomu bbanga ne zijja ne zibeera ku matabi gaagwo.”

Naye Yesu nʼaddamu nti, “Buli kisimbe Kitange ali mu ggulu kyʼataasimba kigenda kusimbulwa.

Awo Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bwʼayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere. Kubanga buli agezaako okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, oyo alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibuwonya. Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye nʼafiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olwʼobulamu bwe? Kubanga Omwana wʼOmuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ngʼebikolwa bye bwe byali.

Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olwʼerinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.

Awo Yesu nʼabagamba nti, “Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼomuntu ssemaka, eyakeera mu makya nʼapangisa abakozi okukola mu nnimiro ye eyʼemizabbibu. Nʼalagaana nʼabapakasi okubasasula omuwendo eddinaali emu emu, ze zaali ensimbi ezʼolunaku olumu. Nʼabasindika mu nnimiro ye eyʼemizabbibu. “Bwe waayitawo essaawa nga bbiri nʼasanga abalala nga bayimiridde mu katale nga tebalina kye bakola, nabo nʼabagamba nti, ‘Nammwe mugende mu nnimiro yʼemizabbibu, era nnaabasasula empeera ebasaanira.’ Ne bagenda. Ku ssaawa omukaaga ne ku mwenda nʼasindikayo abalala mu ngeri yʼemu. “Essaawa nga ziweze nga kkumi nʼemu nʼasanga abalala nga bayimiridde awo, nʼababuuza nti, ‘Lwaki muyimiridde awo olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’ “Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tetufunye atuwa mulimu.’ Nʼabagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange eyʼemizabbibu.’ “Awo obudde nga buwungeera nannyini nnimiro nʼalagira nampala ayite abakozi abawe empeera yaabwe ngʼasookera ku bʼoluvannyuma. “Abaatandika ku ssaawa ekkumi nʼemu ne baweebwa eddinaali emu emu. Bali abaasookayo bwe bajja ne basuubira nti Bo ze banaasasulwa zijja kusingako obungi. Naye nabo yabasasula omuwendo gwe gumu ogwʼolunaku olumu nga bali. Bwe baagifuna ne beemulugunyiza nannyini nnimiro nga bagamba nti, ‘Bano abooluvannyuma baakoledde essaawa emu yokka naye lwaki obawadde empeera eyenkana eyaffe, ffe abaakoze okuva mu makya ne mu musana gwʼomu tuntu?’ “Mukama waabwe kwe kuddamu omu ku bo nti, ‘Munnange si kubbye; bwe wabadde otandika okukola tetwalagaanye eddinaali emu? Twala eddinaali yo ogende. Naye njagala nʼono asembyeyo okumuwa empeera yʼemu nga gye nkuwadde. Siyinza kukozesa byange nga bwe njagala? Obuggya bukukutte kubanga ndi wa kisa?’

“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga eyʼobugole. Nʼatuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga ne batayagala kujja. “Kabaka nʼabatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange nʼente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’ “Naye ne batassaayo mwoyo, omu nʼalaga mu nnimiro ye, omulala nʼalaga mu bya busuubuzi bye. Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta. Awo Kabaka nʼasunguwala, nʼayungula ekibinja kyʼabaserikale nʼazikiriza abatemu abo, nʼayokya ekibuga kyabwe.

“Awo kabaka nʼagamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo kyʼembaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira. Noolwekyo mugende mu nguudo zʼomu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’ Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi nʼabalungi, ekisenge kyʼembaga ne kijjula abagenyi.

“Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olwʼerinnya lyange. Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, nʼabalala baliryamu bannaabwe olukwe, nʼabalala ne bakyawagana. Era bannabbi abʼobulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi.

Era Enjiri eyʼobwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna nʼoluvannyuma enkomerero nʼeryoka etuuka.”

Awo Yesu nʼasemberera abayigirizwa be nʼabategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo nʼokutuukira ddala ensi lwʼeriggwaawo.”

Yokaana yajja ngʼabatiriza mu ddungu, ngʼabuulira okubatiza okwʼokwenenya olwʼokusonyiyibwa ebibi.

Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu nʼajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda, ngʼagamba nti, “Ekiseera kituukiridde, nʼobwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.”

Awo Yesu yali ngʼayita ku lubalama lwʼennyanja yʼe Ggaliraaya, nʼalaba Simooni ne muganda we Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja; kubanga baali bavubi. Yesu nʼabagamba nti, “Mujje mungoberere nange ndibafuula abavubi bʼabantu!” Amangwago ne baleka obutimba bwabwe ne bamugoberera.

Naye Yesu nʼabagamba nti, “Tugende awalala mu byalo ebituliraanye, nʼabeeyo mbabuulire, kubanga ekyo kye najjirira.”

Awo bwe yali ngʼatambula nʼalaba Leevi mutabani wa Alufaayo ngʼatudde we yasoloolezanga omusolo, nʼamugamba nti, “Ngoberera.” Awo Leevi nʼasituka nʼamugoberera.

Nʼalonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. Nʼabawa nʼobuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi nʼababiri be yalonda be bano:

“Muwulirize. Waaliwo omulimi eyafuluma okusiga ensigo. Bwe yali ngʼazimansa ngʼasiga mu nnimiro, ezimu ne zigwa ku mabbali gʼekkubo ennyonyi ne zijja ne zizirya. Nʼendala ne zigwa ku ttaka eryʼekyaziyazi awatali ttaka lingi, ezo ne zimera mangu kubanga tezaali mu ttaka gwanvu. Awo omusana bwe gwayaka ne zikalirawo, kubanga emirandira gyali kungulu. Endala ne zigwa mu maggwa. Awo ensigo ne zikula kyokka amaggwa ne gazitta ne zitabala bibala. Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ezo ne zibala ebibala, ezimu emirundi amakumi asatu, endala emirundi nkaaga, nʼendala kikumi.” Nʼabagamba nti, “Oyo alina amatu agawulira awulire.” Awo bwe yasigala yekka, abayigirizwa be ekkumi nʼababiri nʼabantu abalala, ne bamubuuza amakulu gʼengero ezo ze yabagerera. Yesu nʼabagamba nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ekyama ekifa ku bwakabaka bwa Katonda ekyakisibwa abantu abalala abali ebweru waabwo.” “Balaba bulabi naye nga tebeetegereza, era nʼokuwulira bawulira naye tebategeera, si ku lwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.”

“Kale obanga temutegedde makulu ga lugero luno olwangu bwe luti mulitegeera mutya endala ze ŋŋenda okweyambisa nga njigiriza? Omusizi asiga ekigambo yʼasiga. Ate ensigo ezaagwa ku mabbali gʼekkubo, be bawulira ekigambo, amangwago Setaani nʼajja nʼakibatwalako. Ate ensigo ezaagwa ku kyaziyazi, gyʼemitima gyʼabantu abawulira ekigambo amangwago ne bakyaniriza nʼessanyu. Naye tebalina mirandira, babeera bulungi okusooka, naye olutuukibwako ebizibu oba okuyigganyizibwa olwʼekigambo amangwago babivaako. Ate endala ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, naye okweraliikirira nʼokusikirizibwa ebyʼobugagga nʼokwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala. Ettaka eddungi gyʼemitima gyʼabantu abawulira ekigambo ne bakkiririza ddala era ne bavaamu ebibala, emirundi amakumi asatu, abalala emirundi nkaaga, nʼabalala kikumi.”

Awo Yesu nʼabagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa nʼomusizi asiga ensigo mu ttaka. Ekiro yeebaka, nʼemisana ne yeekolera byʼayagala, mu kiseera ekyo kyonna ensigo ziba zimera, naye ate nga takimanyi. Ku bwalyo ettaka lireeta ekibala. Ensigo zisooka kusindika bulimi bwazo okuva mu ttaka, amatabi ne gajjako ebirimba byʼeŋŋaano. Eŋŋaano bwʼeyengera omusizi ayanguwa mangu nʼakwata akayuuyo, kubanga amakungula gatuuse.”

Awo Yesu nʼayongera nʼabagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeraageranya naki? Oba tukozese lugero ki okubunnyonnyola? Bufaananyizibwa nʼakasigo aka kaladaali! Kubanga newaakubadde katono nnyo okusinga ensigo zonna ezʼoku nsi, naye kavaamu omuti omunene nga gulina amatabi amanene, ennyonyi ezʼomu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”

Yesu nʼatakkiriza, nʼamugamba nti, “Ddayo ewammwe mu bantu bo obabuulire ebintu byonna Mukama byʼakukoledde era nga bwʼakusaasidde.” Awo omusajja oyo nʼagenda ngʼatambula mu Dekapoli (ebibuga ebyʼomu kitundu ekyo) ngʼabuulira abantu Katonda bye yali amukoledde byonna. Bonna abaabiwulira ne bawuniikirira nnyo.

Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri nʼabatuma babiri babiri era nʼabawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu. Nʼabakuutira obutatwala kantu konna okuggyako omuggo ogwʼokutambuza gwokka nti, “Temutwala mmere wadde akagugu newaakubadde ensimbi mu lukoba. Mwambale engatto naye temutwala kkanzu yakubiri.” Nʼabagamba nti, “Era buli nnyumba gye munaayingirangamu musulanga omwo okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo.

Era bwe mutuukanga mu kifo ne batabaaniriza yadde okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo mukunkumuliranga mu kifo omwo enfuufu eyʼomu bigere byammwe, okuba akabonero gye bali.” Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.”

Nʼabagamba nate nti, “Munyooma ekiragiro kya Katonda, ne muggumiza obulombolombo bwammwe.

Era baalina wo nʼebyennyanja bitono, nabyo Yesu nʼabiwa omukisa nʼagamba abayigirizwa be babigabule abantu. Abantu bonna ne balya okutuusa lwe bakkuta, ne bakuŋŋaanya ebyabalema ebisero musanvu ebijjudde. Mu kibiina ekyo mwalimu abantu ngʼenkumi nnya. Nʼabasiibula.

Awo Yesu nʼayita ekibiina wamu nʼabayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Obanga waliwo omuntu ayagala okungoberera, asaanidde okwefiiriza asitule omusaalaba gwe alyoke angoberere. Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Naye oyo awaayo obulamu bwe ku lwange ne ku lwʼEnjiri alibuwonya. Kale omuntu agasibwa ki singa alya ensi yonna, naye nʼafiirwa obulamu bwe? Omuntu ayinza kuweebwa ki, akiwanyise olwʼobulamu bwe?

Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, nʼebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana wʼOmuntu alimukwatirwa ensonyi bwʼalijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”

Yesu nʼamuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu nʼomu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ngʼamaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka nʼamayumba olwʼokunjagala nʼokubuulira Enjiri, ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu nʼokuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo.

“Mwekuume mmwe. Balibaawo mu mbuga zʼamateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali. Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna.

Bwe bali bakwata ne babawaayo, temweraliikiriranga kya kuwoza. Kye munaaweebwanga okwogera mu kiseera ekyo kye munaayogeranga kubanga si mmwe muliba mwogera wabula Mwoyo Mutukuvu yʼaliba ayogerera mu mmwe.”

“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe wʼomwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe ne babatta. Mulikyayibwa abantu bonna, olwʼerinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero yʼalirokolebwa.”

Nʼabagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna. Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga.

Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama nʼabeeranga nabo, nʼanywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ngʼabakozesanga ebyʼamagero.

ngʼabo abaasooka edda bwe baabitubuulira, nga be baali abajulirwa era abaweereza bʼEkigambo okuviira ddala ku lubereberye.

Okumanyisa abantu be obulokozi, obwʼokusonyiyibwa ebibi byabwe.

Malayika nʼabagumya nti, “Temutya, kubanga mbaleetedde amawulire amalungi agʼessanyu eringi, era nga ga bantu bonna.

Yokaana nʼatambulanga ngʼagenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ngʼategeeza abantu obubaka obwʼokubatizibwa obwʼokwenenya olwʼokusonyiyibwa ebibi, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebigambo bya nnabbi Isaaya nti, “Eddoboozi lyʼoyo ayogerera mu ddungu nti, Mulongoose ekkubo lya Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge; Buli kiwonvu kirijjuzibwa, na buli lusozi nʼakasozi birisendebwa, na buli ekyakyama kirigololwa, nʼobukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ezʼomuseetwe. Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”

Yokaana nʼabuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bwʼababuulira Enjiri.

“Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, nʼabazibe bʼamaaso okuzibulwa amaaso balabe, nʼabanyigirizibwa okufuna eddembe,

Naye nʼabaddamu nti, “Kinsaanira okubuulira Enjiri yʼobwakabaka bwa Katonda ne mu bifo ebirala kubanga eyo yʼensonga kyenava ntumibwa.”

Bwe yamala okuyigiriza nʼagamba Simooni nti, “Kale kaakano sembeza eryato lyo ebuziba, mu mazzi amangi, musuule obutimba bwammwe mu nnyanja, mujja kukwasa ebyennyanja bingi!” Simooni nʼaddamu nti, “Mukama waffe, twateganye dda ekiro kyonna, naye ne tutakwasa kantu. Naye ggwe nga bwʼotugambye, nzija kusuula obutimba.” Awo bwe baakola bwe batyo, obutimba bwabwe bwajjula ebyennyanja, ne butandika nʼokukutuka. Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato liri eddala bajje babayambe, ne bajja, amaato gombi ne gajjula ebyennyanja, ne gajula nʼokusaanawo. Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, nʼafukamira mu maaso ga Yesu nʼamugamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo.” Kubanga obungi bwʼebyennyanja bye baakwasa bwa muwuniikirizza nnyo awamu ne banne bwe baavubanga, Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo. Yesu nʼamuddamu nti, “Totya! Okuva kaakano ojjanga kuvuba myoyo gya bantu.” Amaato gaabwe olwagoba ku lubalama ne baleka awo byonna ne bagenda naye.

Oluvannyuma lwʼebyo Yesu nʼavaayo nʼalaba omusolooza wʼomusolo, erinnya lye Leevi ngʼatudde omusolo we gukuŋŋaanyizibwa, nʼamugamba nti, “Ngoberera.” Leevi nʼaleka awo byonna, nʼasitukiramu nʼamugoberera.

“Musanyukanga ku lunaku olwo ne mujaguza, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga ebintu ebyo bajjajjammwe baabikola bannabbi abaabasooka.

Abaatumibwa nʼabaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe bʼamaaso bazibulwa amaaso ne balaba, nʼabalema batambula, nʼabagenge balongoosebwa, nʼabaggavu bʼamatu gagguka ne bawulira, nʼabafu bazuukizibwa, era nʼabaavu babuulirwa Enjiri. Era alina omukisa oyo atanneesittalako.”

Oluvannyuma lwʼebyo Yesu nʼagenda ngʼakyalira ebibuga ebinene nʼebitono ngʼabuulira Enjiri yʼobwakabaka bwa Katonda, nʼabayigirizwa be ekkumi nʼababiri nga bali naye.

“Omulimi yagenda mu nnimiro ye okusiga ensigo. Bwe yatandika okusiga ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali gʼekkubo ne bazirinnyirira, nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga ne bizirya. Ensigo endala zaagwa ku lwazi, bwe zaamera ne zikala kubanga tezaalina mazzi. Ensigo endala zaagwa mu maggwa, bwe zaamera nʼamaggwa nago ne gakula ne gazizisa. Naye ensigo endala nʼazisiga mu ttaka eddungi, ne zikula ne zibala ebibala emirundi kikumi.” Nʼamaliriza ngʼagamba nti, “Alina amatu okuwulira awulire.” Abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu gʼolugero olwo. Nʼabaddamu nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ebyama byʼobwakabaka bwa Katonda, naye abalala, njogera gye bali mu ngero, ‘bwe batunula baleme kulaba, bwe bawulira baleme kutegeera.’

“Kale, amakulu gʼolugero olwo ge gano: Ensigo kyʼekigambo kya Katonda. Ensigo ezaagwa ku mabbali gʼekkubo, be bawulira ekigambo, naye Setaani nʼajja nʼakibaggyako mu mutima gwabwe, si kulwa nga bakkiriza ne balokolebwa. Ezaagwa ku lwazi be bawulira ne basanyukira ekigambo, kyokka ne kitaba na mizzi. Be bakkiriza, naye okugezesebwa bwe kujja ne bagwa. Ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, naye okweraliikirira nʼobugagga nʼamasanyu gʼomu bulamu ne bibazisa, ne bataleeta bibala bikuze bulungi. Naye ezaagwa ku ttaka eddungi be bantu abalungi era abeesigwa, era bakuuma ekigambo ku mitima ne babala ebibala nʼobugumiikiriza.

Nʼagamba omusajja nti, “Ddayo ewammwe obategeeze Katonda byʼakukoledde.” Omusajja nʼagenda ngʼategeeza buli gwe yasanganga mu kibuga, Yesu bye yali amukoledde.

Awo olunaku lwali lumu Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri bonna awamu, nʼabawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu nʼokuwonya endwadde. Nʼabatuma bagende bategeeze abantu ebigambo byʼobwakabaka bwa Katonda era bawonye nʼabalwadde. Nʼabalagira nti, “Temwetwalira kintu kyonna nga mugenda, wadde omuggo, oba ensawo, oba emmere, wadde ffeeza wadde essaati ebbiri. Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga.

Bwe muyingiranga mu kibuga, abantu baamu ne batabaaniriza, mubaviirenga, era bwe mubanga mufuluma mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe, ebe omujulirwa eri bo.” Ne bagenda nga bava mu kibuga ekimu nga badda mu kirala, nga babuulira Enjiri buli wamu era nga bawonya.

Era bonna nʼabagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere! Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe, alibufiirwa. Na buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibulokola. Kubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye nʼafiirwa obulamu bwe?

Buli alinkwatirwa ensonyi, nze nʼebigambo byange, nʼOmwana wʼOmuntu, alimukwatirwa ensonyi, bwʼalijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.

Nʼagamba omusajja omulala nti, “Ngoberera.” Omusajja nʼaddamu nti, “Mukama wange, ndeka mmale okugenda okuziika kitange.” Yesu nʼamugamba nti, “Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda.”

Nʼomulala nʼagamba Yesu nti, “Nnaakugobereranga Mukama wange. Naye sooka ondeke mmale okusiibula abʼomu maka gange.” Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate nʼatunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda.”

Awo oluvannyuma lwʼebyo Yesu nʼalonda abayigirizwa abalala nsanvu mu babiri, nʼabatuma babiri babiri bamukulembere bagende mu buli kibuga ekinene, na buli kifo mwe yali anaatera okutuuka.

Nʼabagamba nti, “Ebyʼokukungula bingi, naye abakozi be batono. Noolwekyo musabe Mukama wʼamakungula, atume abakozi mu nnimiro ye.

Kale, mugende. Kyokka mbatuma ngʼabaana bʼendiga mu misege. Temugenda na nsimbi era temutwala nsawo ya kusabiriza wadde omugogo gwʼengatto, ate temubaako gwe mulamusa mu kkubo.

Naye bwe muyingiranga mu kibuga kyonna ne batabaaniriza, mulaganga mu nguudo zaakyo ne mugamba nti, ‘Nʼenfuufu ekwatidde ku bigere byaffe tugibakunkumulira. Naye mumanye kino nti Obwakabaka bwa Katonda busembedde.’ Mbategeeza nti Ku lunaku luli, Sodomu kigenda kugumiikirizika okusinga ekibuga ekyo.

“Buli abawuliriza mmwe aba awulirizza Nze, na buli abanyooma aba anyoomye Nze, nʼoyo anyooma Nze aba anyoomye eyantuma.”

Abantu bʼe Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu bʼomulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona, naye kaakano oyo asinga Yona ali wano.”

“Era mbategeeza nti Buli anjatula mu maaso gʼabantu, nʼOmwana wʼOmuntu, alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda. Naye oyo anneegaanira mu maaso gʼabantu, nʼOmwana wʼOmuntu alimwegaanira mu maaso ga bamalayika ba Katonda.

“Bwe banaabatwalanga mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso gʼabafuzi ne mu bʼobuyinza temweraliikiriranga kye mulyogera mu kuwoza, kubanga Mwoyo Mutukuvu agenda kubawa ekyʼokwogera mu kiseera ekyo kyennyini.”

Mutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gyʼatasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera. Kubanga obugagga bwammwe gye buli, nʼomutima gwammwe gye gunaabeeranga.

Mulowooza nti Najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbategeeza nti sajja kuleeta mirembe wabula okwawukana. Okuva kaakano amaka gajjanga kwawukanamu, agʼabantu abataano, abasatu ku bo nga bawakanya ababiri, nʼababiri nga bawakanya abasatu. Kitaawe wʼomwana alyawukana ne mutabani we, nʼomwana nʼayawukana ne kitaawe, ne nnyina wʼomwana alyawukana ne muwala we nʼomuwala nʼayawukana ne nnyina, ne nnyazaala balyawukana ne muka mwana we ne muka mwana nʼayawukana ne nnyazaala we.”

Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe bwe mugenda okuzikirira bwe mutyo.”

Yesu nʼamuddamu nti, “Waaliwo omusajja eyateekateeka okufumba embaga ennene, nʼayita abantu bangi. Bwe yamala okutegeka, nʼatuma omuddu we agende ategeeze abaayitibwa nti, ‘Mujje byonna biwedde okutegeka.’ “Naye bonna ne batandika okwewolereza; eyasooka nʼagamba nti, ‘Nnaakagula ennimiro noolwekyo njagala kugenda kugirambula. Nkusaba onsonyiwe, nneme kujja.’ “Omulala nʼagamba nti, ‘Nnakagula emigogo gyʼente ezirima etaano njagala kuzigezaamu. Nkusaba onsonyiwe nneme kujja.’ “Omulala nʼagamba nti ‘Nnawasizza omukazi noolwekyo sisobola kujja.’ “Omuddu nʼakomawo nʼategeeza mukama we ngʼabagenyi be yayita bwe bagambye. Mukama we nʼanyiiga, nʼamulagira agende mangu mu nguudo ezʼomu kibuga ne mu bikubo, ayite abaavu nʼabagongobavu, nʼabalema, ne bamuzibe. “Omuddu nʼagamba mukama we nti, ‘Bonna mbayise nga bwʼondagidde, naye era mu kisenge kyʼembaga mukyalimu ebifo.’ “Nʼagamba omuddu we nti, ‘Genda mu nguudo ezʼomu byalo ne mu bukubo obutono okubirize bʼonoosangayo bajje, ennyumba yange ejjule. Era mbategeeza nti Tewali nʼomu ku abo be nayita alirya ku mbaga yange.’ ”

“Omuntu bwʼanajjanga gye ndi, nʼatakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we nʼabaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange. Era oyo ateetikka musaalaba gwe nʼangoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.

Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna byʼalina, tayinza kuba muyigirizwa wange. “Omunnyo mulungi, naye singa guggwaamu ensa, guzibwamu gutya obuka bwagwo?

Mu ngeri yʼemu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olwʼomwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”

Mbategeeza nti Mu ngeri yʼemu omukozi wʼebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”

Kubanga Omwana wʼOmuntu, yajjirira kunoonya nʼokulokola abaabula.”

Awo Yesu bwe yali ngʼayigiriza era ngʼabuulira Enjiri mu luggya lwa Yeekaalu, bakabona abakulu, nʼabannyonnyozi bʼamateeka nʼabakulembeze bʼAbayudaaya ne bajja gyʼali.

“Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lwʼerinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera. Kiribaviiramu okufuna omukisa okuba abajulirwa bange.

Naye temweraliikiriranga gye muliggya ebigambo ebyʼokuwoza, Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo nʼamagezi ebiriremesa nʼabalabe bammwe okubaako nʼekyʼokuddamu!

Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe. Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange.

Awo Yesu nʼababuuza nti, “Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogwʼengatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?” Ne baddamu nti, “Nedda.” Yesu nʼabagamba nti, “Naye kaakano alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, nʼensawo ngʼeyʼomusabiriza bwe mutyo. Atalina kitala, atunde ku ngoye ze akyegulire!

Era mu linnya lye Enjiri eyʼokwenenya nʼokusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi. Muli bajulirwa bʼebyo,

Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kwʼomubiri, wadde okwagala kwʼomuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda.

Ku lunaku olwaddirira, Yesu nʼagenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo nʼamugamba nti, “Ngoberera.”

Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bwʼatazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” Nikodemo nʼamuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bwʼaba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, nʼazaalibwa?” Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ngʼomuntu azaaliddwa amazzi nʼOmwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, nʼekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. Noolwekyo teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. Empewo ekuntira gyʼeyagala, nʼowulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gyʼeva newaakubadde gyegenda; bwʼatyo bwʼabeera omuntu yenna azaalibwa Omwoyo.”

Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, ne tutegeeza kye twalaba, so temukkiriza bujulirwa bwaffe. Naye obanga temukkiriza bwe mbabuulira ebyʼensi, kale munaasobola mutya okukkiriza bwe nnaababuulira ebyʼomu ggulu?

“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya lyʼOmwana oyo omu yekka owa Katonda. Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa. Naye buli ajja eri omusana akola ebyʼamazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”

Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”

Mmwe temugamba nti, ‘Ekyasigaddeyo emyezi ena amakungula gatuuke?’ Kale muyimuse amaaso gammwe, mutunuulire ennimiro! Amakungula gatuuse. Akungula asasulwa empeera ye era nʼakuŋŋaanyiza ebibala mu bulamu obutaggwaawo, olwo asiga nʼakungula balyoke basanyukire wamu. Bwe kityo ekigambo nti, ‘Omu asiga omulala nʼakungula,’ kyekiva kiba ekyʼamazima. Mbatumye mmwe okukungula kye mutaasiga. Abalala be baasiga naye mmwe mugobolodde.”

“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, nʼakkiriza eyantuma, aba nʼobulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ngʼatuuse mu bulamu.

Kyenvudde mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti Nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”

Awo Yesu nʼagamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala. Era mulitegeera amazima, nʼamazima galibafuula ba ddembe.”

Kale kitugwanidde okukola emirimu gyʼoyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mwʼatasobolera kukola.

“Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ngʼayingira mu kisibo kyʼendiga, naye nʼalinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi.

Kyokka buli agaana Nze era nʼagaana nʼebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olwʼenkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza. Kubanga Nze bye njogera si byange, ku bwange, naye mbategeezezza ebya Kitange bye yandagira okubategeeza.

Yesu nʼaddamu nti, “Nze kkubo, nʼamazima nʼobulamu. Tewali nʼomu ajja eri Kitange wabula ngʼayita mu Nze.

Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olwʼokumukkiriza mulyoke mube nʼobulamu mu linnya lye.

Yesu nʼabagamba nti, “Kale musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olwʼeryato, mujja ku kukwasa.” Awo ne basuula, naye ne batasobola kukannyulula olwʼebyennyanja ebingi bye baakwasa! Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo nʼagamba Peetero nti, “Oyo Mukama waffe!” Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi. Abayigirizwa abalala bo ne bajjira mu lyato nga basika akatimba akaalimu ebyennyanja. Tebaali wala nʼolukalu, baali nga mita kyenda. Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogwʼamanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja nʼomugaati. Yesu nʼabagamba nti, “Muleete ku byennyanja bye muva okukwasa kaakano.” Awo Simooni Peetero nʼagenda nʼawalula akatimba nʼakatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo naye akatimba tekaakutuka.

Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bwʼalimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero zʼensi.”

Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama, alirokolebwa.’ ”

Peetero nʼabagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu. Kubanga ekisuubizo kiri eri mmwe nʼeri abaana bammwe, nʼeri bonna abali mu nsi ezeewala abalikoowoola Mukama Katonda waffe.” Awo Peetero nʼabategeeza mu bigambo ebirala bingi nʼababuulira ngʼagamba nti Mulokolebwe okuva mu mulembe guno ogwakyama.

Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ngʼenkumi ssatu.

nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Mukama nʼabongerangako bulijjo abaalokolebwanga.

Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe, mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda, eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu.

Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gwʼabasajja bokka abakkiriza ne guba ngʼenkumi ttaano!

Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi wʼeggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”

Awo abʼOlukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate nʼokutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ngʼabasajja abo baabeeranga ne Yesu.

Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu. Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda. Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, nʼebigambo bye twawulira.”

Ne kaakano, Ayi Mukama, wulira okutiisatiisa kwabwe; owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo, golola omukono gwo owonye, nʼobubonero nʼebyamagero bikolebwenga mu linnya lyʼOmuweereza wo Omutukuvu Yesu.” Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda nʼobuvumu.

Awo abatume ne babuulira nnyo nʼamaanyi mangi ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna ne bajjula ekisa kingi.

Awo abatume bwe baaleetebwa, ne bayimirira mu maaso gʼOlukiiko Olukulu, Kabona Asinga Obukulu nʼababuuza ngʼagamba nti, “Tetwabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo; naye laba mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, era mumaliridde okutuleetako omusaayi gwʼomuntu oyo.” Naye Peetero nʼabatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu.

Abatume ne bayitibwa, bwe baamala okukubibwa ne balabulwa obutaddayo kwogera mu linnya lya Yesu, ne babata. Abatume ne bava mu Lukiiko nga basanyuka kubanga baasaanyizibwa okukwatibwa ensonyi nʼokubonaabona olwʼErinnya. Awo ne bayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku ne mu maka gʼabantu, nga babuulira Yesu.

Naye abakkiriza abadduka mu Yerusaalemi ne bagenda mu buli kifo nga babuulira Enjiri ya Yesu. Awo Firipo, nʼalaga mu kimu ku bibuga bya Samaliya nʼabuulira abantu Enjiri ya Kristo.

Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ngʼabuulira ku bwakabaka bwa Katonda nʼerinnya lya Yesu Kristo abasajja nʼabakazi ne babatizibwa.

Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda nʼobuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.

Awo Firipo nʼatandika nʼEkyawandiikibwa ekyo nʼamubuulira Enjiri ya Yesu Kristo. Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe nʼagamba nti “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?” Awo Firipo nʼamugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bwʼoba ngʼokkiriza nʼomutima gwo gwonna.” Omulaawe nʼaddamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.” Awo nʼalagira omugoba wʼeggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo nʼamubatiza.

Naye Firipo nʼalabikira mu Azoto, nʼagenda ngʼabuulira Enjiri mu bibuga byonna ebyʼomu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.

Naye Balunabba nʼamuleeta eri abatume nʼabategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era nʼayogera nga bwe yabuulira nʼobuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu. Ne balyoka bamukkiriza nʼabeeranga nabo, nʼayitanga nabo era ngʼalya nabo mu Yerusaalemi. Nʼabuuliranga nʼobuvumu erinnya lya Mukama waffe. Naye ne wabaawo okuwakana nʼokukubaganya ebirowoozo wakati we nʼAbakerenisiti, ne bagezaako okumutta.

Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ngʼababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna. Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya mwonna okusookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lwʼokubatizibwa Yokaana kwe yabuulira.

Nʼatutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu yʼoyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi wʼabantu bonna, abalamu nʼabafu. Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti Buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.” Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo Mwoyo Mutukuvu nʼakka ku abo bonna abali bawuliriza ekigambo!

Awo abatume nʼabooluganda abaali mu Buyudaaya mwonna ne bawulira nti NʼAbamawanga bakkiriza ekigambo kya Katonda.

Nʼatutegeeza nga malayika bwe yamulabikira mu nnyumba ye, nʼamugamba nti, ‘Tuma ababaka e Yopa banoonye Simooni ayitibwa Peetero, ajje akutegeeze ggwe nʼabʼomu nnyumba yo nga bwe muyinza okulokolebwa!’”

Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, nʼAbamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gyʼali abawe obulamu obutaggwaawo.”

Naye, abamu ku bakkiriza abaagenda mu Antiyokiya nga bava e Kupulo nʼe Kuleene ne babuulira Abayonaani ku Mukama waffe Yesu. Awo omukono gwa Mukama ne gubeera wamu nabo, Abaamawanga bangi ne bakkiriza ne bakyuka okudda eri Mukama.

Naye nga tannajja, Yokaana yabuulira abantu bonna mu Isirayiri okubatizibwa okwʼokwenenya.

“Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe

Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga nʼajja okuwulira ekigambo kya Katonda.

Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula nʼobuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti Obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga. Kubanga bwʼatyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti, ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga, olwʼobulokozi okutuuka ku nkomerero yʼensi.’ ”

Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo. Awo ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna.

Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda abʼebitiibwa, nʼabakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina kyʼabantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe. Abatume ne babakunkumulira enfuufu eyʼomu bigere byabwe, ne babaviira ne balaga mu Ikoniya.

Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro lyʼAbayudaaya. Ne babuulira nʼamaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya nʼAbayonaani ne bakkiriza. Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda.

Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira nʼobuvumu, era Mukama nʼakakasanga ekigambo kyʼekisa kye ngʼabawa okukola obubonero nʼebyamagero.

“Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja nʼebintu byonna ebirimu.

Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya, ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.”

Oluvannyuma nga bateeserezza ebbanga ggwanvu, Peetero nʼasituka nʼabagamba nti, “Abooluganda, mwenna mumanyi nga Katonda yannonda dda mu mmwe mu nnaku ezaasooka, mbuulire Enjiri mu baamawanga nabo bakkirize.

Pawulo ne banne ne batambula ne bayita mu nsi yʼe Fulugiya nʼe Ggalatiya kubanga Mwoyo Mutukuvu yali abaziyizza okugenda mu Asiya okubuulirayo Ekigambo. Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda Bisuniya, naye Mwoyo wa Yesu nʼatabakkiriza. Kyebaava bayita obuyisi mu kitundu kya Musiya ne baserengeta e Tulowa. Ekiro ekyo Pawulo nʼafuna okwolesebwa, omusajja Omumakedoni ngʼayimiridde mu maaso ge ngʼamwegayirira nti, “Jjangu ewaffe e Makedoniya otuyambe.” Pawulo bwe yafuna okwolesebwa okwo ne yeetegeka mangu okulaga e Makedoniya, kubanga yakitegeera nga Katonda atutumye okubabuulira Enjiri.

Omukuumi wʼekkomera nʼakankana nnyo ngʼajjudde entiisa nnyingi, nʼalagira ne baleeta ettaala, nʼafubutuka nʼayingira munda, nʼagwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ngʼakankana. Awo nʼabafulumya, nʼababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?” Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe nʼennyumba yo yonna.”

Pawulo, ngʼempisa ye bwe yali, nʼagenda nʼababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu. Nʼabannyonnyola era nʼabalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona nʼokuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.” Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era nʼAbayonaani bangi abatya Katonda awamu nʼabakazi bangi abʼekitiibwa mu kibuga ekyo.

Abayudaaya bʼomu Beroya baali balungi okusinga abʼe Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi nʼessanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti Bya mazima.

Awo Pawulo nʼayimirira mu maaso gaabwe mu Aleyopaago, nʼabagamba nti, “Abasajja bʼomu Asene! Ntegedde nga bwe muli abannaddiini ennyo; kubanga bwe mbadde ntambulatambula ne ndaba ebyoto bya ssaddaaka bingi, ne ku kimu nga kuliko ebigambo bino nti: KYA KATONDA ATAMANYIDDWA: Mubadde mumusinza nga temumumanyi, nange kaakano njagala mbamutegeeze.” “Katonda oyo ye yakola ensi nʼebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama wʼeggulu nʼensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa nʼemikono gyʼabantu, era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini yʼawa buli muntu obulamu nʼomukka gwʼassa nʼebintu byonna. Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ngʼabaggya mu muntu omu, nʼabasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. Nʼateekateeka amawanga agalisituka nʼagaligwa, era nʼebbanga lye galimala. Era nʼagakolera nʼensalo zaago. Yakola bwʼatyo ngʼayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala. Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ngʼomu ku bawandiisi bammwe bwʼagamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’” “Obanga kino kya mazima nti Tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ngʼekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja. Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bwʼomuntu ku bintu ngʼebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya. Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lwʼalisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”

Waaliwo Omuyudaaya erinnya lye Apolo, nga yazaalibwa mu Alegezandereya ekyʼomu Misiri, nʼatuuka mu Efeso. Yali musajja muyigirize nnyo, era ngʼamanyi nnyo Ebyawandiikibwa. Yali ayigirizibbwa Ekkubo lya Mukama, nga wʼamaanyi mu mwoyo, era yayogeranga nʼayigiriza bulungi byonna ebifa ku Yesu, wabula ngʼamanyi kubatizibwa kwa Yokaana kwokka. Nʼatandika okubuulira nʼobuvumu mu kkuŋŋaaniro. Awo Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira, ne bamuyita mu maka gaabwe ne bamunnyonnyola bingi ebyʼEkkubo lya Katonda.

Pawulo nʼayingiranga mu kkuŋŋaaniro buli lwa Ssabbiiti ngʼabuulira nʼobuvumu bungi okumala emyezi esatu, nʼabategeezanga ekyo kyʼakkiriza era nʼensonga kyava akkiriza, nʼasendasenda bangi okukkiriza ebintu byʼobwakabaka bwa Katonda. Naye abamu ne bakakanyaza emitima gyabwe ne bagaana, ne batandika nʼokwogera obubi ku Kkubo mu bibiina. Pawulo nʼabaviira, nʼatwala abakkiriza, ne bakuŋŋaaniranga mu kisenge kyʼessomero lya Tulaano buli lunaku. Ne bamala emyaka ebiri nʼokusingawo nga bakola bwe batyo, era Abayudaaya bonna nʼAbayonaani bonna abaabeeranga mu kitundu ekyo ekya Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama.

Naye saalekayo kubabuulira bituufu ebyʼokubayamba, bwe twabanga tukuŋŋaanye oba bwe najjanga mu maka gammwe, nga ntegeeza Abayudaaya nʼAbayonaani okwenenya badde eri Katonda, nʼokuba nʼokukkiriza mu Mukama waffe Yesu. “Ne kaakano laba nsibiddwa Mwoyo Mutukuvu, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi binaantukako nga ndi eyo. Wabula Mwoyo Mutukuvu antegeeza nti okusibibwa nʼokubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga. Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, nʼobuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri eyʼekisa kya Katonda.

Olituusa obubaka bwe mu bantu bonna ngʼobategeeza byʼolabye era ne byʼowulidde.

Ekiro ekyo Mukama waffe nʼayimirira awali Pawulo, nʼamugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bwʼonjulidde nʼobuvumu wano mu Yerusaalemi, era bwʼotyo bwʼonookola ne mu Ruumi.”

Naye golokoka. Nkulabikidde, nkulonde obeere omuweereza wange era omujulirwa wʼebyo mwʼondabidde era owʼebyo mwe nnaakulabikiranga.

okuzibula amaaso gaabwe bakyuke bave mu kizikiza badde eri omusana, nʼokuva mu buyinza bwa Setaani, badde eri Katonda balyoke basonyiyibwe ebibi bafunire wamu omugabo gwa Katonda nʼabo abatukuzibwa olwʼokunzikiriza.’

Katonda kyavudde ankuuma okutuusa leero ndyoke nyimirire nga ndi mujulirwa eri abʼekitiibwa era nʼaba bulijjo, nga sirina kirala kye njogera, wabula ebyo bannabbi ne Musa bye baategeeza nga bigenda okujja nti Kristo kimugwanira okubonaabona, era abeere omubereberye mu kuzuukira kwʼabafu, alyoke aleetere abantu bano nʼAbamawanga omusana.”

Awo Pawulo nʼamala emyaka ebiri miramba ngʼasula mu nnyumba ye gye yeepangisiza, era nʼayanirizanga buli eyajjanga okumulaba. Nʼabuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era nʼayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.

Okusooka neebaza nnyo Katonda wange ku lwammwe mwenna, ku bwa Yesu Kristo, olwʼokukkiriza kwammwe okunywevu okwogerwako mu nsi yonna.

Kubanga nnina ebbanja eri Abayonaani nʼabatali Bayonaani, nʼeri abʼamagezi nʼeri abasirusiru, era nammwe abʼe Ruumi kyenva njagala okubabuulira Enjiri. Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya nʼeri Omunnamawanga.

Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo nʼatufiirira.

Empeera yʼekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Bwʼoyatula nʼakamwa ko nti, Yesu ye Mukama, nʼokkiriza nʼomutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka. Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe nʼaweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke nʼalokoka. Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe yʼomu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.

Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere byʼabo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.”

Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, “Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?”

Noolwekyo okukkiriza kujja olwʼokuwulira ekigambo kya Kristo. Naye mulowooza Abayisirayiri tebaawulira? Weewaawo baawulira. Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna, nʼebigambo byabwe byatuuka ku nkomerero zʼensi.”

ne mu maanyi agʼobubonero nʼebyʼamagero, ne mu maanyi agʼOmwoyo wa Katonda. Bwe ntyo okuva e Yerusaalemi nʼokwetooloola okutuuka mu Iruliko, mbulidde Enjiri ya Kristo mu bujjuvu.

Kaakano eri oyo ayinza okubanyweza ngʼenjiri yange nʼokubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ngʼekyama kyʼokubikkulirwa ebyʼebiro ebyʼemirembe nʼemirembe ebyasirikirwa, bwe kiri, kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ngʼekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olwʼokugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa,

Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si ku lwa ngʼomusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo. Ekigambo kyʼomusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Ndizikiriza amagezi gʼabagezi, ne nzigyawo okumanya kwʼabayivu.”

Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ngʼensi teyinza kumumanya ngʼeyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bwʼokubuulira Enjiri okulokola abakkiriza. Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi, naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, naye eri abaayitibwa, Abayudaaya nʼAbamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda. Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi gʼabantu, nʼobunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.

Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli. Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa. Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo. Era okubuulira kwange nʼokuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu, okukkiriza kwammwe kuleme kuba kwʼamagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.

Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera ebyʼamagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde agʼabafuzi abʼomu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera ebyʼamagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda nʼedda olwʼekitiibwa kyaffe; tewali nʼomu ku bafuzi abʼomulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama owʼekitiibwa. Naye nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eriiso bye litalabangako, nʼokutu bye kutawulirangako, nʼomutima gwʼomuntu kye gutalowoozangako Katonda bye yategekera abo abamwagala.”

Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, nʼebyʼomunda ennyo ebya Katonda. Kubanga muntu ki ategeera ebyʼomuntu omulala okuggyako omwoyo wʼomuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo nʼebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda. Era kaakano ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda bye yatuwa obuwa, era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okwʼamagezi gʼabantu, naye mu bigambo Omwoyo byʼayigiriza, ebintu ebyʼOmwoyo nga bikwatagana nʼebyʼOmwoyo.

Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gyʼali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo. Naye omuntu owʼOmwoyo akebera ebintu byonna, naye tewali nʼomu amukebera. “Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama, era ani alimulagira? Kyokka ffe tulina endowooza ya Kristo.”

Nange abooluganda ssaasobola kwogera nammwe ngʼabʼomwoyo, naye nayogera nammwe ngʼabʼomubiri era ngʼabaana abawere mu Kristo. Nabanywesa mata so si mmere enkalubo, kubanga mwali temunnagisobola. Naye era ne kaakano temunnagisobola,

Nze nasiga, Apolo nʼafukirira, kyokka Katonda ye yakuza. Kale bwe kityo oyo asiga nʼoyo afukirira si be bakulu wabula Katonda akuza. Oyo asiga kaakano nʼoyo afukirira bali bumu, era buli omu aliweebwa empeera ye okusinziira ku mulimu gwʼaliba akoze. Kubanga ffe tuli bakozi abakolera awamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.

Okusinziira ku kisa kya Katonda ekya mpeebwa, ngʼomuzimbi owʼamagezi, nazimba omusingi, kaakano omulala aguzimbako. Naye buli aguzimbako yeegenderezenga bwʼaguzimbako. Kubanga tewali nʼomu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo. Naye Omuntu bwʼaguzimbisaako ezaabu, effeeza, nʼamayinja agʼomuwendo nʼemiti, nʼessubi, oba ebisasiro; omulimu gwa buli omu gulirabibwa, kubanga omuliro guligwolesa ku lunaku olwo, era omuliro ogwo gwe gulyoreka omulimu gwa buli omu nga bwe guli. Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera. Naye omulimu gwʼomuntu yenna bwe gulyokebwa omuliro, alifiirwa, kyokka ye yennyini alirokolebwa, naye ngʼayita mu muliro.

Kubanga bwe mbuulira Enjiri sisobola kwenyumiriza, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Era ziba zinsanze bwe sigibuulira.

Kubanga bwe mbuulira Enjiri olwʼokweyagalira, mbeera nʼempeera, naye ne bwe mba nga ssaagala, nkikola lwa kubanga nakwasibwa omulimu ogwo. Kale empeera yange yʼeruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olwʼomulimu ogwo nga bwe nsaanidde.

Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olwʼokweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo. Eri Abayudaaya nafuuka ngʼOmuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. Nʼeri abo abafugibwa amateeka nafuuka ngʼafugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ngʼatafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, nʼabo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo. Mu banafu nafuuka ngʼomunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa.

Ne bwe mba nʼekirabo ekyʼokwogera ebyʼobunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba nʼokukkiriza okungi ne kunsobozesa nʼokusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu. Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.

Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu. Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere.

Naye olwʼekisa kya Katonda ndi nga bwe ndi kaakano, era ekisa Katonda kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Kubanga nakola nnyo okusinga abalala bonna, naye si nze nakola wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola. Oba nze oba bo, be baakola ennyo ekyo si kikulu, ekikulu kye kino nti Twababuulira Enjiri era nammwe ne mugikkiriza.

Musirusiru ggwe! Ensigo gyʼosiga temeruka nga tennafa. Era ensigo eyo gyʼosiga eba mpeke buweke; so si ekirivaamu oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala.

Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, nʼakawoowo akʼokumanya, ke tubunyisa wonna. Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa. Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola?

Tetuli ngʼabangi abakozesa ekigambo kya Katonda olwʼokwenoonyeza ebyabwe, naye ffe twogera nga tetuliimu bukuusa. Naye twogera okuva eri Katonda era mu maaso ga Katonda, kubanga twogerera mu Kristo nga tetwekomoma.

Kale obanga obuweereza bwʼamateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa nʼekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olwʼekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako, kale obuweereza obwʼomwoyo tebulisinga nnyo okuba obwʼekitiibwa? Kuba obanga obuweereza bwʼokusalirwa omusango bwa kitiibwa, obuweereza bwʼobutuukirivu businga nnyo ekitiibwa. Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiweebwa mu kigambo kino. Kale obanga ekyo ekiggwaawo kaakano kyajja nʼekitiibwa, ekyo ekitaggwaawo kisinga nnyo ekitiibwa kya kiri ekyasooka.

Olwʼokuba nʼessuubi eringi bwe lityo, kyetuva tuweereza nʼobuvumu bungi,

Ebintu byonna biva eri Katonda eyatukomyawo gyʼali nga tuyita mu Kristo, era ne tuweebwa obuweereza obwʼokutabaganya. Kubanga Katonda yali mu Kristo, ngʼatabagana nʼabantu, nga tababalira, bibi byabwe, nʼatuteresa ffe obubaka obwʼokutabaganya.

Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda.

Kubanga agamba nti, “Nakuwulira mu biro ebituufu, era ne nkuyamba ku lunaku olwʼobulokozi.” Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olwʼobulokozi.

Tetuleeta kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okunenyezebwa,

Kubanga okunakuwala okwʼokwenenya eri Katonda kuleeta obulokozi, era tekuleeta kwejjusa; naye okunakuwala okwʼensi kuleeta kufa.

Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.”

Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate nʼamuwa nʼemmere eyʼokulya, anaayazanga ensigo yammwe era nʼagyongerako, era anaayongeranga ebibala ebyʼobutuukirivu.

era nga tubuulira Enjiri ne mu bitundu ebibali ewala, naye so si mu kitundu ekyʼomulala omwakolebwa edda omulimu waleme okubaawo eyeenyumiriza.

Oba nasobya bwe netoowaza mulyoke mugulumizibwe, bwe nabuulira Enjiri ya Katonda eyʼobwereere?

Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bwʼabuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga. Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bwʼababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga.

Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo. Kubanga abooluganda, mbategeeza nti, Enjiri gye nababuulira teyeesigamizibwa ku muntu,

kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.

Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu kyʼasiga era kyʼalikungula. Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.

Yajja okubuulira emirembe abo abaali ewala ne Katonda, nʼabo abaali okumpi naye.

Era yʼomu oyo eyawa abamu okuba abatume, nʼabalala okuba bannabbi, nʼabalala okuba ababuulizi bʼenjiri, nʼabalala okuba abasumba, nʼabalala okuba abayigiriza. Ekyo yakikola olwʼokutendeka abantu ba Katonda olwʼomulimu ogwʼobuweereza, okuzimba omubiri gwa Kristo. Ekyo kijja kutwongera okugenda mu maaso, okutuusa ffenna lwe tulibeera nʼokukkiriza kumu, nʼokumanyira ddala Omwana wa Katonda nga tukulidde ddala mu mwoyo okutuuka ku kigera ekyʼokubeera nga Kristo bwʼali. Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ngʼabaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogwʼokuyigiriza okwʼabantu abakuusa, mu nkwe olwʼokugoberera enteekateeka eyʼobulimba.

Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe nʼafuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.

Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe ebyʼokwogera, era mbyogerenga nʼobuvumu nga ntegeeza abantu ekyama kyʼEnjiri. Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu nʼobuvumu nga bwe kinsaanira.

Nʼabooluganda mu Mukama waffe abasinga obungi beeyongedde okuguma olwʼokusibibwa kwange, era nga bamaliridde okwaŋŋanga okubuulira nga tebatya. Weewaawo abamu bategeeza abantu Kristo lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi. Bano bakikola lwa kwagala, kubanga bamanyi nga nalondebwa lwa kulwanirira Njiri. Naye bali bategeeza Kristo lwa kuvuganya, so si mu mazima, nga balowooza nti Banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu. Naye nze nfaayo ki? Kristo bwʼabuulirwa, mu buli ngeri, oba za bukuusa oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi. Era nzija kweyongera okusanyuka.

Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi eryʼEnjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo. Kaakano nsanyuka olwʼokubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lwʼomubiri gwe, ye Kkanisa. Katonda yateekateeka okunfuula omuweereza wʼEkkanisa ye ku lwammwe, ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda mu bujjuvu. Ekyama ekyakwekebwa okuva edda nʼedda lyonna, nʼemirembe nʼemirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be. Katonda bwʼatyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obwʼekitiibwa kyʼekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era lyʼessuubi eryʼekitiibwa. Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ngʼatuukiridde mu Kristo.

nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe eyʼomugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo;

nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, nʼokutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa. Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako. Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo nʼamagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina. Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ngʼenoga omunnyo, mulyoke mumanye ekyʼokwanukulanga buli muntu yenna.

Kubanga Enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo kyokka, wabula ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu bukakafu obungi, era nga bwe mumanyi nga twabeeranga wakati mu mmwe ku lwammwe. Nammwe mwagoberera Mukama waffe era ne mukola nga bwe twakolanga bwe mwakkiriza ekigambo wakati mu kubonaabona okungi nga mulina essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu,

Mumanyi nga bwe twabonaabonera e Firipi, nʼokuyisibwa obubi kyokka ne tugumira mu Katonda waffe ne tubategeeza Enjiri ya Katonda nga tuli mu kuwakanyizibwa okungi. Kubanga okubuulirira kwaffe tekwali kwa bulimba so tekwali kwa bugwenyufu, wadde okwʼobukuusa, naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda nʼatwesiga nʼEnjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ngʼabaagala okusanyusa abantu, wabula tusiimibwe Katonda, oyo akebera ebirowoozo byʼemitima gyaffe. Tetugezangako kubawangula na bigambo biwaaniriza nga nammwe bwe mumanyi, wadde okuba abʼomululu era Katonda akimanyi, newaakubadde okunoonyaamu ekitiibwa, newaakubadde okuva eri mmwe wadde abantu abalala, tulyoke tulabike ngʼabatume ba Kristo abʼamaanyi. Naye twefuula ngʼabaana abato mu maaso gammwe, nga nnyina wʼabaana bwe yandyagadde abaana be, bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo ne tusanyuka okubatuusaako si Enjiri ya Katonda yokka naye nʼokuwaayo emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwafuuka baagalwa baffe. Abooluganda mujjukire okufuba kwaffe nʼokutegana kwaffe; bwe twakolanga emisana nʼekiro tuleme okubazitoowerera, nga tubabuulira Enjiri ya Katonda.

Bwʼalijja okugulumizibwa mu batukuvu be ku lunaku luli abo bonna abamukkiriza balyewuunya kubanga mwakkiriza bye twabategeeza ku ye.

ge yabayitira ngʼayita mu Njiri yaffe mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo. Noolwekyo abooluganda, munywererenga ku ebyo bye twabayigiriza mu bbaluwa zaffe oba mu bigambo byaffe.

Lwananga okulwana okulungi okwʼokukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, nʼoyatula okwatula okulungi mu maaso gʼabajulirwa abangi.

Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olwʼEnjiri ngʼoyambibwa amaanyi ga Katonda, eyatulokola nʼatuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ngʼasinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ngʼebikolwa byaffe bwe biri, naye olwʼekigendererwa kye ye, nʼekisa kye, kye yatukwatirwa ngʼayita mu Kristo Yesu okuva edda nʼedda Lyonna. Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kwʼOmulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, nʼaleeta obulamu obutazikirizibwa ngʼayita mu Njiri, gye nalonderwa okugisaasaanya, nʼokuba omutume, era omuyigiriza, era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti Ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.

Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso gʼabajulirwa abangi biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala.

Kyenva ngumira ebintu byonna olwʼabalonde nabo balyoke balokolebwe era bafune, nʼekitiibwa ekitaggwaawo ekiri mu Kristo Yesu. Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti: “Obanga twafiira wamu naye, era tulibeera balamu wamu naye. Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Obanga tumwegaana era naye alitwegaana.

Ebyo bijjukizenga abantu ngʼobakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutalina mugaso, nga bakyamya abo abawuliriza. Fubanga okweraga ngʼosiimibwa Katonda, ngʼoli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo eryʼobubaka obwʼamazima. Weewalenga ebigambo ebinyooma era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi mu butatya Katonda.

buuliranga ekigambo kya Katonda, ngʼoli mwetegefu mu kiseera ekituufu nʼekitali kituufu, ngʼolaga ebikwekeddwa, ngʼonenya, ngʼozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, nʼokubonaabona okungi, nʼokuyigiriza. Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olwʼokugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira. Baligaana okuwuliriza ebyʼamazima, ne bagoberera enfumo obufumo. Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ngʼokola omulimu ogwʼomubuulizi wʼenjiri, ngʼotuukiririza ddala obuweereza bwo.

Kyokka Mukama waffe yabeera nange, nʼampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bwʼatyo nʼanziggya mu kamwa kʼempologoma.

Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise,

Nsaba nti Nga bwʼogenda otegeeza abantu okukkiriza kwo, nabo kubanyweze mu bulamu bwabwe, nga bategeerera ddala ebirungi byonna ebiri mu ffe ku bwa Kristo. Nsanyuka nnyo era ne nziramu amaanyi olwʼokwagala kwo, kubanga emitima gyʼabatukuvu giziddwa buggya ku lulwo owooluganda. Noolwekyo newaakubadde era, nga nnina obuvumu mu Kristo, nga nandisobodde okukulagira okukola ekyo kyʼosaanira okukola,

Noolwekyo ngʼekisuubizo ekyʼokuyingira mu kiwummulo kye, bwe kikyaliwo, twerinde, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu. Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa. Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti, “Nasunguwala ne ndayira nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ” Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kwʼensi.

Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala ekyʼobwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme nʼomwoyo, nʼennyingo nʼobusomyo, era kyawula ebirowoozo nʼokufumiitiriza kwʼomutima. Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.

Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene.

Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era nʼabo abamunoonya nʼobwesigwa abawa empeera.

Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye nʼatafuga lulimi lwe, aba yeerimba, nʼeddiini ye teriiko kyʼegasa.

Abooluganda, singa omu ku mmwe akyama nʼava ku mazima, ne wabaawo amukomyawo, omuntu oyo akomyawo munne eri Katonda, aba awonyezza omwoyo gwa munne okufa era ngʼamuleetedde nʼokusonyiyibwa ebibi byonna.

Bannabbi bano Katonda yabalaga nti Ebyo tebabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. Era kaakano Enjiri ebuuliddwa gye tuli ffenna. Yatubuulirwa mu maanyi ga Mwoyo Mutukuvu eyava mu ggulu. Bino byʼebintu ne bamalayika bye bayaayaanira okutegeera.

Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era ekyʼolubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. Kubanga, “Abantu bonna bali ngʼomuddo, nʼekitiibwa kyabwe kiri ngʼekimuli kyʼomuddo. Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa. Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.” Era ekigambo ekyo yʼEnjiri eyababuulirwa.

Ngʼabaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata agʼomwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe, kubanga mwalega ku bulungi bwa Mukama.

Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza, naye eri abatakkiriza “Lye jjinja abazimbi lye batasaako mwoyo, lyʼeryo eryafuuka eryʼoku nsonda.” Era “Lye jjinja abantu lye beekoonako, lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe kyʼateekebwateekebwa.

Naye mwe muli kika kironde, bakabona bwʼobwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza nʼabayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika.

Mutyenga Mukama waffe Kristo mu mitima gyammwe. Era bulijjo mubenga beetegefu okuddamu buli ababuuza okunnyonnyola essuubi lyammwe, era muddengamu nʼobuwombeefu, awamu nʼeggonjebwa. Mubenga ba mutima mulungi, abo ababavuma era ababoogerako ekibi olwʼempisa zammwe ennungi olwʼokuba nga muli ba Kristo, balyoke baswale.

Kubanga tetwagoberera ngero bugero ezaagunjibwa wabula twabategeeza ebyo bye twalabirako ddala, ebyʼamaanyi nʼokukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era nʼobukulu bwe.

Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ngʼabamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.

Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa nʼokutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.

Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda. Ku kino abaana ba Katonda nʼaba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda.

Naye ffe tuli bantu ba Katonda, era buli amanyi Katonda atuwuliriza; atali wa Katonda tatuwuliriza. Eyo yʼengeri gye tusobola okwawulamu omwoyo ogwʼamazima nʼomwoyo ogwʼobulimba.

Obanga tukkiriza obujulirwa bwʼabantu, obujulirwa bwa Katonda tusaana okubukkiriza ennyo nʼokusingawo, kubanga bwe businga obukulu ngʼategeeza ku Mwana we. Kale buli akkiririza mu Mwana wa Katonda akyetegeezeza ddala ye yennyini. Oyo atakkiririza mu Katonda ngʼamufudde mulimba, kubanga takkiriza ekyo Katonda kyʼayogera ku Mwana we. Era buno bwe bujulirwa nti: “Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu buno buli mu Mwana we.”

eyategeeza ekigambo kya Katonda nʼobujulirwa bwa Yesu Kristo ku byonna bye yalaba.

Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange nʼaggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi.

Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nga bagamba nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe eyʼobwakabaka era bwa Mwana gwʼEndiga.”

Era ndiwa abajulirwa bange ababiri nga bambadde ebikutiya ne bawa obunnabbi okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga (1,260).” Abajulirwa abo ababiri gyʼemiti emizeeyituuni ebiri era ettabaaza ebbiri, abayimirira mu maaso ga Mukama owʼensi yonna. Omuntu yenna agezaako okubakolako akabi azikirizibwe nʼomuliro oguva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe; era omuntu yenna bwʼayagala okubakolako akabi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa. Balina obuyinza okuggalawo eggulu enkuba nʼetetonnya mu nnaku ezʼobunnabbi bwabwe, era balina nʼobuyinza okufuula amazzi omusaayi nʼokuleeta buli kubonaabona kwonna ku nsi buli lwe banaabanga baagadde.

Bwe balimala okuwa obujulirwa bwabwe, ensolo enkambwe eva mu bunnya obutakoma erirangirira olutalo ebalwanyise, era ebatte nʼokubawangula ebawangule. Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo zʼekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba; ekibuga ekiyitibwa “Sodomu” mu mwoyo oba ensi eya “Misiri” mu mwoyo Era okumala ennaku ssatu nʼekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu abamu nʼebika, nʼennimi, nʼamawanga mu nguudo zʼekibuga. Tewali nʼomu alikkirizibwa kubaziika. Era walibaawo okusanyuka ku nsi, abantu bonna nga bajaguza nʼokuweerezagana ebirabo, nʼokwekulisa bannabbi abo ababiri abaliba bafudde abaali bababonyaabonya ennyo. Naye oluvannyuma lwʼennaku essatu nʼekitundu omwoyo gwʼobulamu oguva eri Katonda ne gubayingiramu ne bayimirira. Awo okutya kungi ne kujjira buli muntu yenna eyabalaba.

Ne bamuwangula olwʼomusaayi gwʼOmwana gwʼEndiga, nʼolwʼekigambo ekyʼobujulirwa bwabwe, ne bawaayo obulamu bwabwe nga tebatya na kufa.

Awo ogusota, nga gwonna gujjudde obusungu bungi, ne gugenda okulumba abaana bʼomukazi abalala, abo bonna abaali bakwata amateeka ga Katonda era nga bajulira Yesu. Ne guyimirira ku lubalama lwʼennyanja.

Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa.

Oluvannyuma lwʼebyo ne mpulira oluyoogaano lwʼabantu abangi mu ggulu nga bagamba nti, “Aleruuya! Obulokozi nʼekitiibwa nʼamaanyi bya Katonda waffe.

Malayika nʼaŋŋamba nti, “Wandiika nti Balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo kyʼembaga eyʼobugole eyʼOmwana gwʼEndiga.” Nʼayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.” Ne ndyoka ngwa wansi ku bigere bye okumusinza naye ye nʼaŋŋamba nti, “Tokikola! Kubanga nange ndi muddu wa Katonda nga ggwe era ngʼabooluganda abalala abanywerera ku ebyo Yesu bye yatumanyisa! Ssinza Katonda. Okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gwʼobunnabbi.”

Awo ne ndaba entebe ezʼobwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gyʼabo abaatemebwako emitwe olwʼokunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi.

“Laba, nzija mangu nsasule buli omu ngʼebikolwa bye bwe biri.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net