26 – Gavumenti
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Gavumenti.
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Gavumenti.
Ate, era Manase yayiwa omusaayi mungi gwʼabo abataaliko musango, nʼagujjuza Yerusaalemi, obutasaako ebibi ebirala bye yayonoonyesa Yuda, ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama.
”Lwaki amawanga geegugunga nʼabantu ne bateganira obwereere okusala enkwe? Bakabaka abʼensi bakuŋŋaanye, nʼabafuzi ne bateeseza wamu ku Mukama ne ku Kristo we, nga bagamba nti, “Ka tukutule enjegere zaabwe, era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.” Naye Katonda oyo atuula mu ggulu, abasekerera busekerezi, nʼenkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
”Awo malayika owʼomusanvu nʼafuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti, “Obwakabaka bwʼensi eno kati bufuuse bwa Mukama waffe ne Kristo we, era anaafuganga emirembe nʼemirembe.” Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza nga bagamba nti, “Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna, ggwe aliwo kati era eyaliwo, kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo, Era ofuga.” “Amawanga gaakunyiigira, naye kaakano naawe kyʼekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo era kyʼekiseera okusalira abo abaafa omusango, nʼokuwa empeera abaweereza bo bannabbi, nʼabatukuvu bo, nʼabo abatya erinnya lyo abakulu nʼabato, nʼokuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.”
”Mukama Katonda nʼakola omuntu okuva mu nfuufu eyʼoku nsi nʼamufuuwa mu nnyindo omukka ogwʼobulamu. Omuntu nʼaba omulamu.
”Buli anaayiwanga omusaayi gwʼomuntu, nʼogugwe gunaayiibwanga, kubanga mu kifaananyi kya Katonda, Katonda mwe yakolera omuntu.
”Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ngʼokuzaalibwa kwabwe bwe kwali, nʼamawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lwʼamataba.
”Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu. Abantu bwe baava oluuyi olwʼebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinali ne babeera omwo. Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba nʼamatoffaali mu kifo kyʼamayinja, ne kolaasi mu kifo kyʼettosi. Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omwala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.” Naye Katonda nakka okulaba ekibuga nʼomunaala, abaana bʼabantu kye baali bazimba. Mukama nʼayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa eyʼebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.” Bwʼatyo Mukama nʼabasaasaanya ne babuna ensi yonna, nʼekibuga kyabwe ne batakimaliriza. Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lwʼensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.
”Nange ndikufuula eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, nʼerinnya lyo ne ndifuula kkulu, olyoke obeere mukisa.
”Katonda nʼamugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna: zaala oyale, eggwanga ne nkuyanja yʼamawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka balisibuka mu ggwe.
”Gwʼonoofuganga olubiri lwange, era abantu bange banaakolanga kyonna kyʼonoobalagiranga; wabula nze kabaka nʼabanga waggulu wo.” Awo Falaawo nʼagamba Yusufu nti, “Laba, nkutadde wo okufuga ensi yonna eyʼe Misiri.” Olwo Falaawo nʼalyoka aggya empeta ku ngalo ye nʼaginaanika Yusufu, nʼamwambaza ekyambalo ekya linena omulungi, nʼomukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe. Nʼamuwa nʼokutambuliranga mu ggaali lye eriddirira mu kitiibwa ngʼerya Falaawo mwe yatambuliranga. Bonna ne bavuunama mu maaso ga Yusufu nga bwe bagamba nti, “Muvuuname.” Bwʼatyo Falaawo nʼamuteekawo okufuga ensi yonna eyʼe Misiri. Falaawo nʼagamba Yusufu nti, “Nze Falaawo, naye awatali kigambo kyo tewali muntu aliyimusa mukono gwe newaakubadde ekigere kye mu Misiri.”
”Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni nʼasuula omuggo gwe wansi awali Falaawo nʼabaweereza be, ne gufuuka omusota. Falaawo naye nʼatumya basajja be abagezigezi, nʼabalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe agʼekyama. Kubanga nabo baasuula wansi emiggo gyabwe, ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe. Naye era omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nga Mukama bwe yali agambye.
”Awo Musa nʼagamba Falaawo nti, “Mukama agambye bwʼati nti, ‘Nga wakati mu ttumbi, nzija kuyita mu Misiri yonna. Ebibereberye mu nsi yʼe Misiri bijja kufa, okutandikira ku mubereberye wa Falaawo agenda okumusikira, okutuukira ddala ku mubereberye wʼomuwala omuzaana asa ku lubengo; era nʼebibereberye byonna ebyʼebisolo. Wajja kubaawo okukungubaga okunene mu nsi yonna eya Misiri, okutabangawo era nga tewagenda kubaawo kukwenkana. Naye mu baana ba Isirayiri nʼembwa teribaayo gwʼeboggolera wadde ebisolo byabwe; mulyoke mutegeere nga Mukama Abamisiri nʼAbayisirayiri tabayisa bumu.’ Era bano abakungu bo bonna balijja gye ndi nga babundabunda, ne banvuunamira nga banneegayirira nti, ‘Genda, ggwe nʼabantu bo bonna abakugoberera.’ Oluvannyuma lwʼebyo nange ndigenda.” Nʼava awali Falaawo nʼobusungu bungi nnyo.
”Awo ekiro mu ttumbi Mukama nʼatta ebibereberye byonna mu nsi yʼe Misiri, okuviira ddala ku mubereberye wa Falaawo eyali owʼokumusikira, okutuuka ku mubereberye wʼomusibe ali mu kkomera; era nʼente embereberye zonna. Falaawo nʼazuukuka mu kiro wakati, ye nʼabaweereza be bonna, nʼAbamisiri bonna; Misiri yonna nʼejjula okukungubaga, kubanga tewaaliwo nnyumba nʼemu omutaafa muntu.
”Mukama anaafuganga emirembe nʼemirembe.”
”Nkusaba ompulirize nkusalire ku magezi, ne Katonda ngʼali naawe. Osaana obeere omubaka wʼabantu ewa Katonda, era omutuusengako ensonga zaabwe. Bayigirize amateeka nʼebiragiro, era obalage nga bwe basaana okweyisanga, awamu nʼemirimu gye basaanidde okukola. Londayo abasajja abalina ebisaanyizo, ngʼobaggya mu bantu bonna, abasajja abatya Katonda, abʼamazima era abatalya nguzi; obawe obukulembeze, ngʼabamu bavunaanyizibwa abantu enkumi, nʼabalala abantu ebikumi, nʼabamu ebibiina ebyʼataano nʼabalala ebyʼekkumi kkumi. Bawe obuyinza okulamulanga abantu ebbanga lyonna, naye ngʼemisango emizibu bagikuleetera, emisango emyangu bo bagisalenga. Ekyo kinaawewulanga ku buzito bwʼomugugu gwo, kubanga banaabanga bagukukwatirako.
”Musa nʼalonda mu Isirayiri yonna abasajja abasobola, nʼabafuula abakulembeze bʼabantu; nga bavunaanyizibwa enkumi, nʼabalala ebikumi, nʼabamu amakumi ataano ataano, nʼabalala kkumi kkumi. Ne balamula abantu ebbanga lyonna. Emisango emizibu nga bagireetera Musa, naye emyangu nga bagisala.
”Munaabeeranga obwakabaka bwange obwa bakabona, era eggwanga ettukuvu.’ Ebyo bye bigambo byʼojja okutegeeza abaana ba Isirayiri.” Awo Musa nʼakomawo, nʼayita abakulembeze bʼabantu nʼabategeeza ebigambo ebyo byonna Mukama bye yamulagira.
”“Tovumanga Katonda, wadde okwogera obubi ku bafuzi bammwe.
”“ ‘Temwereetangako obutali bulongoofu nga mugoberera amayisa ago amabi; kubanga nʼamawanga ge ŋŋenda okugoba mu nsi mwe mujja okuyingira bwe geefuula bwe gatyo agatali malongoofu; nʼensi nʼefuuka etali nnongoofu, ne ngibonereza olwʼebyonoono byayo, nʼabantu baamu abagibeeramu nʼebasesema. Naye mmwe mukuumenga ebiragiro byange nʼamateeka gange. Abazaaliranwa ne bannamawanga abali mu mmwe tewabanga nʼomu anaakolanga ku bintu ebyo nʼakatono ebikyayibwa ennyo bwe bityo. Kubanga ebintu ebyo byonna byakolebwanga abantu abaabasooka mmwe okubeera mu nsi omwo, ensi nʼefuuka etali nnongoofu. Ensi eyo bwe muligifuula etali nnongoofu, egenda kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okugibeeramu.
”“ ‘Kale nno, mukwatenga amateeka gange gonna nʼebiragiro byange byonna, era mubikolerengako, ensi mwe mbatwala okutuulanga eryoke ereme kubasesema. Era temugobereranga mpisa ezʼamawanga ge ŋŋenda ngoba mu nsi eyo; kubanga baakola ebintu ebyo byonna, noolwekyo mbakyawa nnyo. Naye nabategeeza nti, “Mulisikira ensi yaabwe, era ndigibawa ne mugirya, ye nsi omukulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki.” Nze Mukama Katonda wammwe eyabaawula ku mawanga amalala.
”Ago ge mateeka nʼebiragiro nʼamateeka amakulu Mukama ge yakolera abaana ba Isirayiri, nga bwe yalagira Musa, ku lusozi Sinaayi.
”Bwʼolimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa, nʼogirya, nʼobeera omwo, oliyinza okugamba nti, “Leka neeteekerewo kabaka ananfuganga okufaanana ngʼamawanga amalala gonna aganneebunguludde;” Weegenderezanga nʼossaawo kabaka oyo Mukama Katonda wo gwʼanaakulonderanga. Kikugwanira okumuggyanga mu bantu bo bennyini. Tokkirizibwenga kwessizangawo kabaka omunnaggwanga anaabanga tavudde mu baganda bo bennyini, okukufuganga. Kabaka oyo tateekwa kwefuniranga mbalaasi nnyingi, wadde okutumanga abantu mu Misiri bamufunirengayo embalaasi endala okwongeranga ku zʼalina obungi; kubanga Mukama yagamba nti, “Temuddangayo kukwata kkubo eryo,” Tawasanga bakazi bangi kubanga bagenda kumukyamyanga. So tekimugwanira kwetuumangako zaabu nʼeffeeza ennyingi ennyo.
”Bwʼanaamalanga okutebenkera ku ntebe eyʼobwakabaka bwe, anaakoppololeranga amateeka gano mu kitabo ngʼagaggyanga ku ga bakabona, Abaleevi. Ekitabo ekyo anaabeeranga nakyo bulijjo, era anaakisomanga ennaku zonna ezʼobulamu bwe, alyokenga ayige okutyanga Mukama Katonda we, ngʼagobereranga nʼobwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ne mu biragiro, nga teyeekulumbaza kusukkirira ku bannansi banne, era nga takyama kuva ku mateeka gano okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. Bwʼanaakolanga bwʼatyo, ye, nʼezzadde lye banaafuganga mu bwakabaka bwe, mu Isirayiri, okumala ennaku nnyingi.
”Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaago abantu bonna bwe yabayawulayawulamu, yategeka ensalo zʼamawanga ngʼomuwendo gwʼabaana ba Isirayiri bwe gwali.
”Awo abantu ba Isirayiri ne bagamba Gidyoni nti, “Tufugire ddala ggwe ne mutabani wo, kubanga otulokodde okuva mu mukono gwa Midiyaani.” Naye Gidyoni nʼabaddamu nti, “Nze sijja kubafuga, so ne mutabani wange tajja kubafuga, wabula Mukama yʼanaabafuganga.”
”Mu biro ebyo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri, era buli muntu yakolanga nga bwʼalaba.
”Samwiri bwe yakaddiwa, nʼalonda batabani be okuba abalamuzi ba Isirayiri. Erinnya lya mutabani we omukulu ye yali Yoweeri, nʼowokubiri nga ye Abiya, ne balamulanga mu Beeruseba. Naye batabani be ne batagoberera mpisa ze, ne bakyama ne banoonya amagoba, ne balya enguzi, era nga tebalamula mu bwenkanya.
”Naye bwe baayogera nti, “Tuwe kabaka anaatukulemberanga,” ne kitasanyusa Samwiri. Samwiri nʼasaba eri Mukama. Awo Mukama nʼagamba Samwiri nti, “Wuliriza ebigambo byonna abantu bye bakugamba. Tebajeemedde ggwe, naye bajeemedde nze nneme kuba kabaka waabwe.
”Kaakano bawulirize, naye obalabulire ddala, era obategeeze ebintu byonna kabaka anaabafuga byʼalibakola.” Awo Samwiri nʼategeeza abantu abaali bamusaba kabaka, ebigambo byonna Mukama bye yamugamba. Nʼabagamba nti, “Bino bye bintu kabaka alibafuga byʼalibakola: alitwala batabani bammwe nʼabafuula abagoba abʼamagaali ge nʼabeebagazi abʼembalaasi ze, nʼabamu okuddukiranga mu maaso agʼamagaali ge. Abamu ku bo alibafuula abaduumizi bʼenkumi, nʼabalala nʼabafuula abaduumizi bʼataano, nʼabalala okumulimiranga ennimiro ze nʼokuzikungulanga, nʼabalala okuweesanga ebyokulwanyisa nʼebintu ebyʼamagaali ge. Alitwala bawala bammwe, okumuteekerateekera ebyakaloosa, nʼokumufumbiranga, nʼokumukoleranga emigaati. Alitwala ennimiro zammwe ennungi, nʼennimiro zammwe ezʼemizabbibu nʼezʼemizeeyituuni, nʼaziwa abaweereza be. Alitwala ekimu ekyʼekkumi ekyʼemmere yammwe eyʼempeke, nʼekyʼennimiro zammwe ezʼemizabbibu, nʼakigabira abakungu be nʼabaweereza be. Alitwala abaweereza bammwe abasajja nʼabaweereza bammwe abakazi, nʼabavubuka bammwe abasinga obulungi nʼendogoyi, nʼabyeddiza. Alitwala ekimu ekyʼekkumi ku bisibo byammwe, mmwe nʼabafuula abaweereza be. Luliba lumu, mulyekkokkola kabaka wammwe gwe mwerondera, naye Mukama talibafaako ku lunaku olwo.”
”Naye abantu ne bagaana okuwuliriza Samwiri, ne boogera nti, “Nedda! Twagala kabaka okutufuga, naffe tubeere ngʼamawanga amalala gonna, nga tulina kabaka atufuga ayinza okutukulembera nʼatulwanira entalo zaffe.”
”Awo Samwiri olwalengera Sawulo, Mukama nʼamugamba nti, “Omusajja gwe nakutegeezezzaako wuuyo. Oyo yʼajja okufuga abantu bange.”
”Awo Samwiri nʼaddira eccupa eyʼamafuta nʼagifuka ku mutwe gwa Sawulo, nʼamunywegera ngʼagamba nti, “Mukama akufuseeko amafuta okufuga abantu be, Isirayiri.
”Naye kaakano mujeemedde Katonda wammwe eyabalokola okuva mu buyinike bwammwe nʼennaku yammwe, ne mwogera nti, Nedda, tuteerewo kabaka atufuge.’ Kale mweyanjule mu maaso ga Mukama mu bika byammwe ne nnyiriri zammwe nga bwe biri.”
”Samwiri nʼagamba abantu bonna nti, “Mulaba omusajja Mukama gwʼalonze? Tewali amwenkana mu bantu bonna.” Abantu ne baddamu nʼeddoboozi eddene nti, “Wangaala Kabaka.” Samwiri nʼannyonnyola abantu ebiragiro nʼobulombolombo ebyʼobwakabaka, nʼabiwandiika mu kitabo nʼakiteeka mu maaso ga Mukama. Awo Samwiri nʼasiibula abantu bonna, buli omu nʼaddayo ewuwe.
”Sawulo naye nʼaddayo ewaabwe mu Gibea, ngʼawerekerwako abasajja abazira Katonda be yali akomyeko ku mitima. Naye abamu ku basajja abʼeffujjo ne boogera nti, “Omusajja ono ayinza atya okutulokola?” Ne bamunyooma, era ne batamuwa na birabo. Naye Sawulo nʼakisirikira nʼatabanyega.
”Awo Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Omwoyo wa Katonda nʼamukkako mu maanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo. Nʼaddira ente bbiri, nʼazitemaatema, nʼaziwa ababaka ne bazitwala okubuna ensi yonna eya Isirayiri ngʼagamba nti, “Buli ataagoberere Sawulo ne Samwiri, ente ze ezirima bwe zityo bwe zinaakolebwa.” Entiisa ya Mukama nʼegwa ku bantu, ne bakuŋŋaana wamu nʼomutima gumu.
”Awo abantu ne bagamba Samwiri nti, “Ani eyali abuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Mubatuwe tubatte.”
”Awo abantu bonna ne bagenda e Girugaali mu maaso ga Mukama ne bakakasa Sawulo okuba kabaka. Era mu kifo ekyo ne baweerayo ssaddaaka ezʼebiweebwayo olwʼemirembe mu maaso ga Mukama, Sawulo nʼAbayisirayiri bonna ne basanyuka ne bajaguza nnyo ne bakola nʼentujjo eyʼamaanyi.
”Naye bwe mwalaba Nakkasi kabaka wʼAbamoni ngʼabalumba, newaakubadde nga Mukama Katonda wammwe ye yali kabaka wammwe ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, ffe twagala kabaka okutufuga.’ Kaakano kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba wuuno, era laba Mukama ataddewo kabaka okubafuga. Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga, ne mugonderanga eddoboozi lye, ne mutajeemera biragiro bye, mmwe ne kabaka abafuga ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe, kinaabanga kirungi. Naye bwe mutaagonderenga Mukama, ne mu mujeemera ebiragiro bye, omukono gwe gunaalwananga nammwe, nga bwe kyali ku bajjajjammwe.
”Awo abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Tusabire eri Mukama Katonda wo, ffe abaweereza bo, tuleme kufa, kubanga twongedde ku bibi byaffe ebirala byonna, bwe twasabye kabaka.” Samwiri nʼaddamu abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ebibi ebyo byonna, naye temuvanga ku Mukama, kaakano mumuweerezenga nʼomutima gwammwe gwonna.
”Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mmwe ne kabaka wammwe mulizikirizibwa.”
”Nʼalinda okumala ennaku musanvu, ebbanga Samwiri lye yali amulaze, naye Samwiri nʼatajjirawo e Girugaali, nʼabasajja ba Sawulo ne batandika okumuvaako. Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa nʼekiweebwayo olwʼemirembe.” Nʼawaayo ekiweebwayo ekyokebwa. Naye bwe yali yakamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samwiri nʼatuuka. Sawulo nʼagenda okumwaniriza. Samwiri nʼamubuuza nti, “Kiki kino kyʼokoze?” Sawulo nʼaddamu nti, “Bwe nnalabye ngʼabasajja batandise okusaasaana, ate nga tozze mu kiseera kye walaga, ate nga nʼAbafirisuuti bakuŋŋaanira e Mikumasi, ne ndowooza nti, ‘Kaakano Abafirisuuti bagenda kukkirira okunnumba e Girugaali, nga sinnaba kwegayirira kufuna mukisa gwa Mukama, kyenvudde mpalirizibwa okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa.’ ” Samwiri nʼagamba Sawulo nti, “Okoze kya busirusiru, obutakuuma kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira. Singa wakikuumye, Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo okufuga Isirayiri emirembe gyonna. Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera. Mukama anoonyezzaayo omusajja alina omutima ogumunoonya era amulonze okuba omukulembeze wʼabantu be, kubanga tokuumye kiragiro kya Mukama.”
”Naye Samwiri nʼamugamba nti, “Mukama asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, okusinga okugondera eddoboozi lya Mukama? Okugonda kusinga ssaddaaka, era nʼokuwuliriza kusinga amasavu gʼendiga ennume. Kubanga obujeemu buli ngʼekibi ekyʼokusamira, era nʼobukakanyavu buli ngʼekibi ekyʼokusinza bakatonda abalala. Kubanga ojeemedde ekigambo kya Mukama, naye akugaanye okuba kabaka.”
”Awo Sawulo nʼagamba Samwiri nti, “Nyonoonye. Najeemedde ekiragiro kya Mukama era nʼebigambo byo, kubanga natidde abantu ne ŋŋendera ku bigambo byabwe. Kaakano nkusaba, osonyiwe ekibi kyange, okomewo nange nsobole okusinza Mukama.” Naye Samwiri nʼamuddamu nti, “Sijja kuddayo naawe kubanga ovudde ku kigambo kya Mukama, ne Mukama akugaanye okuba kabaka wa Isirayiri.”
”Awo Samwiri nʼaddira ejjembe lyʼamafuta, nʼagamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama nʼakka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri nʼaddayo e Laama.
”Naye oluvannyuma Dawudi nʼawulira okulumirizibwa mu mutima olwʼokusala ku kirenge kyʼekyambalo kya Sawulo. Nʼagamba abasajja be nti, “Kikafuuwe, nze okukola mukama wange ekintu ekifaanana bwe kityo, Mukama gwe yafukako amafuta, wadde okumugololerako omukono, kubanga Mukama yamufukako amafuta.” Nʼebigambo ebyo Dawudi nʼaziyiza abasajja be nʼatabakkiriza kulumba Sawulo. Awo Sawulo nʼava mu mpuku, nʼagenda. Oluvannyuma, Dawudi naye nʼafuluma empuku, nʼakoowoola Sawulo ngʼayogera nti, “Mukama wange kabaka!” Awo Sawulo nʼakyuka nʼatunula emabega, Dawudi nʼavuunama nʼakka wansi ne yeeyala ku ttaka.
”Kaakano ntegeeredde ddala ngʼonoobeera kabaka, era nʼobwakabaka bwa Isirayiri bulinywezebwa mu mukono gwo. “Kale nno ndayirira eri Mukama, nga tolizikiriza bazzukulu bange newaakubadde okusaanyaawo erinnya lyange mu nnyumba ya kitange.” Awo Dawudi nʼalayirira Sawulo. Sawulo nʼaddayo ewuwe, naye Dawudi ne basajja be ne baddayo mu kifo gye baali beekwese.
”Naye Dawudi nʼaddamu Abisaayi nti, “Tomuzikiriza, kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta, nʼataba na musango? Mukama nga bwʼali omulamu, Mukama yennyini yali mukuba. Luliba lumu, olunaku lwe lulituuka nʼafa, oba aligenda mu lutalo nʼazikiririra eyo. Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta. Naye ddira effumu nʼeccupa eyʼamazzi ebiri emitwetwe we obisitule tugende.” Awo Dawudi nʼaggyawo effumu nʼeccupa eyʼamazzi ebyali emitwetwe wa Sawulo ne bagenda. Tewali yabalaba newaakubadde okukitegeera, wadde okusisimuka, kubanga bonna Mukama yali abeebasiza otulo tungi nnyo.
”Dawudi nʼamugamba nti, “Lwaki tewatya kuzikiriza omuntu Mukama gwe yafukako amafuta?” Awo Dawudi nʼayita omu ku basajja be, nʼamugamba nti, “Mutte.” Nʼamufumita nʼamutta. Dawudi nʼamugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ngʼoyogera nti, ‘Nnatta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”
”Awo abantu ba Yuda ne bajja mu Kebbulooni, ne bafukirako eyo Dawudi amafuta okuba kabaka wʼennyumba ya Yuda. Dawudi nʼategeezebwa nti abantu abʼe Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo,
”Ennaku zo bwe ziriggwaako, nʼowummula ne bajjajjaabo, ndikuza ezzadde lyo eririva munda yo likusikire, era ndinyweza obwakabaka bwe. Oyo yalizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ye eyʼobwakabaka bwe ennaku zonna. Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bwʼanasobyanga nnaamukangavvulanga nʼomuggo ogwʼabantu nʼenga ezʼabantu. Naye okwagala kwange tekumuvengako, nga bwe kwava ku Sawulo, gwe naggya mu maaso go. Ennyumba yo nʼobwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo eyʼobwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.” ’ ” Nasani nʼategeeza Dawudi ebigambo byonna ebyʼokubikkulirwa kwe.
”Dawudi nʼafuga Isirayiri yenna, ngʼafuga abantu be bonna mu bwenkanya ne mu mazima.
”Katonda wa Isirayiri yayogera, olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti, ‘Omuntu bwʼafuga nʼobutuukirivu, nʼafugira mu kutya Katonda,
”Ne babuulira kabaka nti, “Nasani nnabbi ali wano.” Awo nʼayingira mu maaso ga kabaka, era nʼavuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.
”Zadooki kabona nʼaggya ejjembe eryʼamafuta mu weema, nʼafuka amafuta ku Sulemaani. Awo ne bafuuwa ekkondeere, abantu bonna ne baleekaana mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Kabaka Sulemaani awangaale.” Abantu bonna ne bambuka okumugoberera nga bafuuwa endere, era nga basanyuka essanyu lingi, ettaka nʼokwatika ne lyatika olwʼoluyoogaano olunene.
”Sulemaani nʼayagala Mukama, ngʼatambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe, newaakubadde nga yaweerangayo ssaddaaka era ngʼayotereza nʼobubaane ku bifo ebigulumivu. Awo kabaka nʼagenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekikulu mu byonna, era Sulemaani nʼaweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi.
”Mukama nʼalabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda nʼamugamba nti, “Saba kyʼoyagala kyonna kye mba nkuwa.” Sulemaani nʼaddamu nti, “Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gyʼoli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gyʼoli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gyʼali nʼomuwa omwana okutuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka leero. Kaakano, Ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo okuba kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Naye ndi mwana muto era simanyi ngeri ya kuddukanyaamu mirimu gyange. Omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga ekkulu, eritabalika. Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi nʼekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?” Mukama nʼasanyuka kubanga Sulemaani yasaba ekyo. Katonda nʼamugamba nti, “Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kwa balabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango, nʼakola kyʼosabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana. Era ndikuwa, ne byʼotosabye: obugagga nʼekitiibwa waleme kubeerawo kabaka akwenkana mu kiseera kyo. Era bwʼonootambuliranga mu makubo gange, nʼokukwatanga amateeka gange nʼebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yakola, ndyongera ku nnaku zo.”
”Awo Sulemaani nʼayimirira mu maaso gʼekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isirayiri nga kiraba, nʼayanjuluza emikono gye eri eggulu, nʼayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tewali Katonda akufaanana mu ggulu waggulu oba wansi ku nsi, gwe akuuma endagaano yo eyʼokwagala nʼokuuma nʼabaddu bo abatambulira mu maaso go nʼemitima gyabwe gyonna.
”Kabaka Sulemaani yalina obugagga bungi nnyo nnyini, nʼamagezi mangi nnyo okusinga bakabaka abalala bonna ku nsi.
”Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bannaggwanga bangi: Abamowaabu, nʼAbamoni, nʼAbayedomu, nʼAbasidoni, nʼAbakiiti, ngʼokwo kwʼogasse muwala wa Falaawo, nga bava mu mawanga Mukama ge yayogerako ngʼalabula Abayisirayiri nti, “Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.” Naye omutima gwa Sulemaani ne guwugulwa, era naabagala. Sulemaani yalina abakyala lusanvu abambejja, nʼabakazi abalala ebikumi bisatu, era abo bonna ne bamuwabya. Mu bisera bya Sulemaani ebyʼobukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala. Nʼatanula okusinza Asutoleesi katonda omukazi owʼAbasidoni, ne Mirukomu katonda owʼomuzizo owʼAbamoni. Sulemaani nʼakola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama nʼatagobererera ddala Mukama, nʼatakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola. Sulemaani nʼazimba ebifo ebigulumivu ku kasozi akali ebuvanjuba wʼe Yerusaalemi, ngʼabizimbira Kemosi katonda owʼomuzizo owʼAbamowaabu, ne Moleki katonda owʼomuzizo owʼAbamoni. Bakyala be bonna bannamawanga, abaayoterezanga obubaane eri bakatonda baabwe, nabo nʼabakolera bwʼatyo.
”Mukama nʼasunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwava ku Mukama Katonda wa Isirayiri, eyamulabikira emirundi ebiri. Newaakubadde nga Mukama yali alabudde Sulemaani obutagoberera bakatonda abalala, Sulemaani teyagondera kiragiro kya Mukama. Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti, “Olwʼempisa zo, nʼobutakuuma ndagaano yange newaakubadde okugondera amateeka gange ge nakulagira, ndikuggyako obwakabaka, ne mbuwa omu ku baddu bo.
”Oluvannyuma lwʼennaku ssatu, Yerobowaamu nʼabantu bonna, ne baddayo eri Lekobowaamu, nga bwe yali abagambye okudda oluvannyuma lwʼennaku essatu. Awo kabaka nʼaddamu abantu nʼebboggo, nʼagaana amagezi abakadde ge baamuwa, nʼagoberera agʼabavubuka, nʼayogera nti, “Kitange yafuula ekikoligo kyammwe okuba ekizito, naye nze nnaayongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nno nze nnaabakangavvula na njaba ezʼobusagwa.”
”Yerobowaamu nʼazimba amasabo mu bifo ebigulumivu nʼalonda bakabona ngʼabaggya mu bantu abaabulijjo, newaakubadde nga tebaali ba kika kya Leevi. Nʼakola embaga ku lunaku olwʼekkumi nʼettaano mu mwezi ogwʼomunaana, okufaanana nʼembaga ebeerawo mu Yuda, era nʼawaayo ebyokebwa ku kyoto. Kino yakikola mu Beseri ngʼawaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola. Nʼassa bakabona mu bifo ebigulumivu bye yali akoze e Beseri.
”Awo kabaka Yerobowaamu bwe yawulira omusajja wa Katonda bye yayogera, nʼayogera nʼeddoboozi eddene ku kyoto e Beseri ngʼawanise omukono gwe mu maaso gʼekyoto nti, “Mumukwate!” Omukono gwe yawanika eri omusajja wa Katonda ne gukala ne gukalambalirayo nʼokuyinza nʼatayinza kuguzza. Nʼekyoto ne kyatikamu, nʼevvu ne liyiika ngʼakabonero omusajja wa Katonda ke yawa olwʼekigambo kya Mukama.
”Oluvannyuma lwʼekigambo ekyo Yerobowaamu nʼatakyuka kuleka amakubo ge amabi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona abʼebifo ebigulumivu ngʼabaggya mu bantu abaabulijjo. Buli eyayagalanga okubeera kabona, nʼamwawulanga okubeera mu bifo ebigulumivu. Kino kye kyali ekibi kyʼennyumba ya Yerobowaamu ekyagireetera okugwa, okugimalawo nʼokugizikiriza okuva ku nsi.
”Oyonoonye nnyo okusinga bonna abaakusooka. Weekoledde bakatonda abalala, nʼokola nʼebifaananyi ebisaanuuse nʼonneerabira; onsunguwazizza nnyo. “ ‘Kyendiva nsanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu, era ndiggyawo ku Yerobowaamu buli mwana owoobulenzi yenna mu Isirayiri, omuddu nʼatali muddu. Ndiyokya ennyumba ya Yerobowaamu, ngʼomuntu bwʼayokya obusa, okutuusa lwe liggweerawo ddala.
”Era aliva ku Isirayiri olwʼebibi bya Yerobowaamu nʼebyo byʼayonoonesezza Isirayiri.”
”Awo mu mwaka ogwʼekkumi nʼomunaana ogwʼobufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu nʼatandika okufuga Yuda. Yafugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Nnyina ye yali Maaka muwala wa Abusaalomu. Nʼakola ebibi byonna kitaawe bye yakolanga, omutima gwe ne gutatuukirira mu maaso ga Mukama Katonda we ngʼomutima gwa jjajjaawe Dawudi bwe gwali.
”Asa nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. Nʼagoba mu nsi abaalyanga ebisiyaga, era nʼaggyawo nʼebifaananyi ebyakolebwa nʼemikono byonna bajjajjaabe bye baakola. Era nʼagoba ne jjajjaawe Maaka ku bwa namasole kubanga yali akoze empagi ya Asera. Asa nʼagitema era nʼagyokera ku kagga Kidulooni. Newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, omutima gwe gwali ku Mukama ennaku ze zonna.
”Nadabu mutabani wa Yerobowaamu nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri mu mwaka ogwokubiri ogwʼobufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda. Yafugira Isirayiri emyaka ebiri. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, ngʼatambulira mu ngeri za kitaawe ne mu kibi kye, ebyaleetera Isirayiri okwonoona.
”olwʼebibi bya Yerobowaamu bye yakola, era bye yayonoonyesa Isirayiri, nʼokusunguwaza ne bisunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri.
”Awo mu mwaka ogwokusatu ogwʼobufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya nʼafuuka kabaka wa Isirayiri yonna e Tiruza, era nʼafugira emyaka amakumi abiri mu ena. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, ngʼatambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri.
”Omuntu yenna owa Baasa bwʼalifiira mu kibuga, omulambo gwe guliriibwa embwa, nʼabo abalifiira ku ttale, ennyonyi ezʼomu bbanga zirirya emirambo gyabwe.”
”Ekigambo kya Mukama ne kituukirira, ekyajjira Yeeku mutabani wa Kanani ekikwata ku Baasa nʼennyumba ye olwʼebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, ngʼamusunguwaza olwʼebyo bye yakola, nʼolwʼokwonoona ngʼafaanana ennyumba ya Yerobowaamu, ate era nʼolwʼokuba nga yagisaanyaawo.
”Bwʼatyo Zimuli nʼasaanyaawo ennyumba ya Baasa yonna, ngʼekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa ngʼayita mu nnabbi Yeeku, olwʼebibi bya Baasa ne mutabani we Era bye baakola nʼokwonoonyesa Isirayiri, nga basunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa.
”Zimuli bwe yalaba ngʼekibuga kiwambiddwa, nʼaddukira mu lubiri olwʼomunda, olubiri lwonna nʼalukumako omuliro. Nʼafiira omwo. Ekyo kyamutuukako olwʼebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, nʼokutambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye yakola, ne bye yayonoonyesa Isirayiri.
”Naye Omuli nʼakola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama, era nʼayonoona nnyo okusinga nʼabo abaamusooka. Nʼatambulira mu ngeri zonna eza Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri era nʼasunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa.
”Akabu mutabani wa Omuli nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama okusinga bonna abaamusooka. Teyakoma ku kukola bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, naye era nʼawasa ne Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka wʼAbasidoni, era nʼatandika okuweereza nʼokusinza Baali. Yazimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya. Akabu nʼakola nʼempagi ya Baaseri, ne yeeyongera nnyo okusunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, okusinga bakabaka abalala bonna aba Isirayiri abaamusooka.
”Olwali olwo nga Yezeberi atandika okutta bannabbi bonna aba Mukama, Obadiya nʼaddira bannabbi kikumi nʼabakweka mu mpuku bbiri buli emu ngʼerimu amakumi ataano ataano, nʼabaweeranga omwo emmere nʼamazzi.
”Akabu bwe yalaba Eriya, nʼamubuuza nti, “Ggwe wuuyo, gwe ateganya Isirayiri?” Eriya nʼaddamu nti, “Sinnateganya Isirayiri, naye ggwe nʼennyumba ya kitaawo, muvudde ku biragiro bya Mukama ne mugoberera ba Baali. Kaakano kuŋŋaanya abantu bonna okuva mu Isirayiri yonna bajje ku lusozi Kalumeeri era oleete ne bannabbi ba Baali ebikumi ebina mu ataano wamu ne bannabbi ba Baaseri ebikumi ebina, abaliira ku mmeeza ya Yezeberi.”
”Awo Akabu nʼabuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola, ne bwe yatta bannabbi bonna nʼekitala. Yezeberi nʼatumira Eriya omubaka okumugamba nti, “Bakatonda bankole bwe batyo nʼokukirawo, bwe siifuule obulamu bwo okuba ngʼobulamu bwʼomu ku bo, essaawa nga zino enkya.”
”Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti, “Serengeta eri Akabu kabaka wa Isirayiri afugira mu Samaliya, kubanga laba ali mu nnimiro eyʼemizabbibu eya Nabosi era agenze okugitwala. Mugambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Tosse omusajja nʼokutwala nʼotwala obugagga bwe? Olyoke omugambe nti Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Mu kifo embwa wezikombedde omusaayi gwa Nabosi, embwa mwezirikombera ogugwo.’ ” Akabu nʼagamba Eriya nti, “Onsanze, ggwe omulabe wange!” Nʼamuddamu nti, “Nkusanze, kubanga weewaddeyo okukola ebibi mu maaso ga Mukama. Mukama agamba nti, ‘Laba ndikuleetako akabi, ndimalawo ennyumba yo yonna, era ndiggya ku Akabu buli musajja yenna mu Isirayiri, omuddu nʼatali muddu. Ndifuula ennyumba yo okuba nga eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, nʼeya Baasa mutabani wa Akiya, olwʼokusunguwaza kwe wansunguwaza bwe wayonoonyesa Isirayiri.’ “Ate era nʼeri Yezeberi Mukama bwʼati bwʼagamba nti, ‘Embwa ziririira Yezeberi okuliraana bbugwe wʼe Yezuleeri. Embwa ziririira omuntu yenna owa Akabu alifiira mu kibuga, ate ennyonyi zirye abo bonna abalifiira ku ttale.’ ”
”Tewali musajja eyafaanana nga Akabu, eyeewaayo okukola ebibi mu maaso ga Mukama ngʼawalirizibwa mukazi we Yezeberi. Yakola ebyʼekivve ngʼagoberera ebifaananyi byʼabakatonda, ngʼAbamoli be yagoba mu maaso gʼabantu ba Isirayiri bwe baakolanga. Awo Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, nʼayuza engoye ze, nʼayambala ebibukutu nʼokusiiba nʼasiiba. Nʼagalamira mu bibukutu, era nʼatambula nga yeewombeese. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti, “Olabye Akabu bwe yeewombeese mu maaso gange? Olwʼokubanga yeewombeese mu maaso gange, sirireeta kabi ako mu mirembe gye, naye ndikaleeta mu nnyumba ye mu mirembe gya mutabani we.”
”Ne booleza eggaali lye awaali ekidiba kya Samaliya, bamalaaya we baanaabiranga, embwa ne zikomba omusaayi gwe, ngʼekigambo kya Mukama bwe kyayogerwa. Ebyafaayo ebirala ebyʼomulembe gwa Akabu, nʼebyo bye yakola, nʼolubiri lwe yazimba nʼalulongoosa nʼamasanga, nʼebibuga bye yazimbako bbugwe, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
”Nʼatambulira mu ngeri za kitaawe Asa era nʼatazivaamu, ngʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, abantu ne beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka nʼokwokya obubaane. Yekosafaati nʼatabagana ne kabaka wa Isirayiri.
”Awo Akaziya mutabani wa Akabu nʼalya obwakabaka kabaka bwa Isirayiri mu Samaliya mu mwaka ogwʼekkumi nʼomusanvu ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, era nʼafuga Isirayiri okumala emyaka ebiri. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, ne yeeyisa nga kitaawe bwe yeeyisanga, era nga ne nnyina bwe yakolanga, ate era nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati, eyaleetera Isirayiri okwonoona bwe yakolanga. Yaweereza era nʼasinza Baali, nʼasunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, mu ngeri zonna nga kitaawe bwe yakola.
”Eriya nʼagamba kabaka nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Nsonga ki eyakutwala eri Baaluzebubi bakatonda bʼe Ekuloni okulagulwa, mu kifo kyʼokulaga eri Katonda wa Isirayiri ne gwʼoba weebuuzako?’ Kyʼoliva olema okuva ku kitanda ekyo kye weebaseeko, era ojja kufa.” Nʼafa, ngʼekigambo kya Mukama kye yatuma Eriya bwe kyali. Olwokubanga Akaziya teyalina mwana wabulenzi, Yekolaamu nʼamusikira okuba kabaka, mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati eyali kabaka wa Yuda.
”Mu mwaka ogwʼekkumi nʼomunaana ogwʼobwakabaka bwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, Yekolaamu mutabani wa Akabu nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri e Samaliya, era nʼafugira emyaka kkumi nʼebiri. Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyatuuka ku bibi bya kitaawe ne nnyina. Yazikiriza nʼempagi eya Baali kitaawe gye yali asimbye. Newaakubadde ngʼekyo yakikola, teyalekayo kukola ebibi ngʼebyo Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola, nʼayonoonyesa Isirayiri.
”Mu mwaka ogwokutaano nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati, kabaka wa Yuda, nʼatandika okufuga Yuda. Yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri, we yaliira obwakabaka, era nʼafugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. Yekolaamu nʼatambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri ngʼabʼennyumba ya Akabu bwe baakola, nʼokuwasa nʼawasa omu ku bawala ba Akabu. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama.
”Akaziya yalina emyaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka, nʼafugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli kabaka wa Isirayiri. Nʼatambulira mu makubo ga bʼennyumba ya Akabu nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, ngʼabʼomu nnyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu.
”Bwe yatuuka, nʼasanga ngʼabaserikale abakulu abʼomu ggye bakuŋŋaanye nʼayogera nti, “Nnina obubaka bwo, ssebo omuduumizi.” Yeeku nʼamubuuza nti, “Bwʼani ku ffe ffenna?” Nʼamuddamu nti, “Bubwo, ggwe omuduumizi.” Yeeku nʼasituka nʼayingira mu nnyumba, nnabbi nʼamufukako amafuta, nʼayogera nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nkufukako amafuta okuba kabaka wʼabantu ba Mukama, Abayisirayiri. Olizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, nga mpalana eggwanga olwʼomusaayi gwʼabaddu ba Mukama bonna, Yezeberi gwe yayiwa. Ennyumba yonna eya Akabu erisaanyizibwawo, era ndizikiririza ddala buli mwana wabulenzi, oba muddu oba wa ddembe mu Isirayiri.
”Yeeku nʼagenda Yezeberi gye yali, Yezeberi nʼakimanya, nʼasiiga amaaso ge, nʼalongoosa enviiri ze, nʼatunula ebweru ngʼasinziira mu ddirisa. Awo Yeeku bwe yali ngʼayingirira mu wankaaki, Yezeberi nʼamubuuza nti, “Ojja mirembe, ggwe Zimuli, eyatemula mukama wo?” Yeeku nʼayimusa amaaso ge waggulu, nʼakoowoola ngʼabuuza nti, “Ani ali ku ludda lwange? Ani?” Abalaawe babiri oba basatu ne balingiza mu ddirisa. Nʼayogera nti, “Mumusuule wansi!” Ne bamusuula wansi, nʼomusaayi gwe ogumu ne gumansukira ekisenge ne ku mbalaasi, nʼokumulinyirira ne zimulinnyirira. Awo Yeeku nʼayingira, nʼalya era nʼanywa. Nʼayogera nti, “Mulabirire omulambo gwʼomukazi oyo eyakolimirwa, era mulabe nga guziikibwa kubanga yali mumbejja.” Naye bwe bagutuukako, tebaalina kye basangawo okuggyako akawanga ke, nʼebigere bye, nʼebibatu byʼemikono gye. Ne baddayo eri Yeeku ne bamutegeeza. Nʼabagamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama, kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ngʼagamba nti, ‘Mu kibangirizi kyʼe Yezuleeri, embwa mwe ziririira omulambo gwa Yezeberi. Era omulambo gwa Yezeberi guliba ngʼobusa ku ttale mu kibangirizi kyʼe Yezuleeri, omuntu yenna aleme okugamba nti, Ono ye Yezeberi.’ ”
”Awo Yeeku nʼakuŋŋaanya abantu bonna, nʼabagamba nti, “Akabu yaweerezaako Baali ebbanga ttono naye Yeeku anaamuweereza okusingawo. Kale nno muyite bannabbi bonna aba Baali, bakabona be bonna, nʼabaweereza be bonna, waleme okubulawo nʼomu kubanga ŋŋenda okuwaayo ssaddaaka enkulu ennyo eri Baali, ne buli ataabeerewo alittibwa.” Naye okukola ekyo, Yeeku yasala lukwe alyoke azikirize abaasinzanga Baali. Yeeku nʼalagira nti, “Mukole olukuŋŋaana olutukuvu eri Baali.” Ne balulangirira. Awo nʼaweereza obubaka okubuna Isirayiri yonna, abaweereza ba Baali bonna ne bajja, nʼokusigala nʼetasigala muntu nʼomu. Ne bakuŋŋaanira mu ssabo lya Baali, ne lijjulira ddala okuva ku luuyi olumu okutuukira ddala ku luuyi olulala. Yeeku nʼagamba eyavunaanyizibwanga ebyambalo byabwe nti, “Leetera abaweereza ba Baali bonna ebyambalo.” Bonna nʼabaleetera ebyambalo. Awo Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bagenda mu ssabo lya Baali. Yeeku nʼagamba abaweereza ba Baali nti, “Mwetegereze nnyo mulabe nga mu mmwe temuliimu muweereza wa Mukama, wabula abasinza Baali bokka.” Ne bayingira okuwaayo ssaddaaka nʼebiweebwayo ebyokebwa. Naye Yeeku yali atadde abasajja kinaana ebweru wʼessabo, ngʼabalabudde nti, “Omuntu yenna anaataako nʼomu ku basajja abo be ntadde mu mikono gyammwe, anaaliwa nʼobulamu bwe ye.”
”Ne bamenyaamenya empagi ya Baali, ne bamenyaamenya ne ssabo lya Baali, ne balifuula kabuyonjo ne leero.
”Naye Yeeku nʼatassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isirayiri. Era teyakyuka okuva mu kkubo eryʼebibi erya Yerobowaamu, lye yayonoonyesa Isirayiri.
”Bwe yatunula, laba, nga kabaka ayimiridde awali empagi, ngʼempisa bwe yabanga, nʼabaami nʼabafuuwa amakondeere nga bayimiridde okuliraana kabaka, nʼabantu bonna abʼomu nsi nga basanyuka era nga bwe bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya nʼayuza ebyambalo bye, nʼaleekaanira waggulu nti, “Bujeemu, bujeemu!”
”Yekoyaasi nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, ebbanga lyonna, kubanga Yekoyaada kabona ye yamuyigirizanga. Wabula, ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, nʼabantu ne beeyongeranga okuwaayo ssaddaaka nʼokwoterezanga obubaane ku bifo ebyo.
”Mu mwaka ogwʼamakumi abiri mu esatu ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda, Yekoyakaazi nʼafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya era nʼafugira emyaka kkumi na musanvu. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama ngʼakola ebibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri, ate nʼatabirekaayo.
”Awo mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu omusanvu ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi nʼafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era nʼafugira emyaka kkumi na musanvu. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nʼatalekaayo ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula ne yeeyongera bweyongezi okubikola.
”Mu mwaka ogwokubiri ogwʼobufuzi bwa Yowaasi mutabani wa Yowakaazi kabaka wa Isirayiri, Amaziya mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Yuda nʼalya obwakabaka. Yali aweza emyaka amakumi abiri mu etaano weyatandikira okufuga, era nʼafugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye ye yali Yekoyadiini owʼe Yerusaalemi. Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga tebyenkana bya jjajjaawe Dawudi bye yakola. Mu buli nsonga yonna yagobereranga ekyokulabirako kya Yowaasi kitaawe. Kyokka beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka nʼokwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu kubanga byali tebiggyiddwawo.
”Mu mwaka ogwʼekkumi nʼettaano ogwʼobufuzi bwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Isirayiri nʼafuuka kabaka mu Samaliya, era nʼafugira emyaka amakumi ana mu gumu. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nʼatakyuka okuva mu bibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
”Mu mwaka ogwʼamakumi abiri mu omusanvu ogwʼobufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Azaliya mutabani wa ssekabaka Amaziya nʼalya obwakabaka bwa Yuda. Yalina emyaka kkumi na mukaaga bwe yatandika okufuga, nʼafugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Yekoliya owʼe Yerusaalemi. Yakola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yali akoze. Wabula ebifo ebigulumivu gye baweeranga ssaddaaka tebyaggibwawo, era abantu beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka nʼokwoterezangayo obubaane. Awo Mukama nʼaleetera kabaka obulwadde nʼagengewala, ennaku ze zonna okutuusa bwe yafa, era nʼaggyibwako emirimu egyʼobuvunaanyizibwa nʼateekebwa mu nnyumba eyʼenjawulo. Azaliya nʼasigira Yosamu mutabani we okuvunaanyizibwanga ensonga zonna ezʼomu lubiri, era nʼafuganga nʼabantu abʼomu nsi.
”Mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu omunaana ogwʼobufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, nʼafugira emyezi mukaaga. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe bwe baakola, nʼatakyuka okuva mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
”Awo Sallumu mutabani wa Yabesi nʼatandika okufuga mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu mwenda ogwʼobufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, era nʼafugira omwezi gumu mu Samaliya. Menakemu mutabani wa Gaadi nʼava e Tiruza nʼagenda okulumba Sallumu mutabani wa Yabesi e Samaliya, era nʼamutta. Ye nʼafuuka kabaka mu kifo kye.
”Mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu mwenda ogwʼobufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri, era nʼafugira emyaka kkumi mu Samaliya. Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, era ebbanga lyonna we yabeerera kabaka, nʼatakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
”Mu mwaka ogwʼamakumi ataano ogwʼobufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era nʼafugira emyaka ebiri. Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, nʼatakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
”Mu mwaka ogwʼamakumi ataano mu ebiri ogwʼobufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Peka mutabani wa Lemaliya nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era nʼafugira emyaka amakumi abiri. Yakola ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
”Mu mwaka ogwokubiri ogwʼobufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Yosamu mutabani wa Uzziya nʼalya obwakabaka bwa Yuda. Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yatandikira okufuga, era nʼafugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Yerusa muwala wa Zadooki. Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola. Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, era abantu ne beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka nʼokwoterezangako obubaane. Yaddaabiriza nʼOmulyango ogwʼekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama.
”Mu mwaka ogwʼekkumi nʼomusanvu ogwʼobufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Akazi mutabani wa Yosamu kabaka wa Yuda, nʼatandika okufuga. Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yatandikira okufuga, era nʼafugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda we, obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi. Nʼatambulira mu ngeri za bassekabaka ba Isirayiri, era nʼokuwaayo nʼawaayo mutabani we ngʼekiweebwayo, ngʼagoberera ebyʼemizizo ebyʼamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gʼAbayisirayiri. Nʼawangayo ssaddaaka, era nʼayoterezanga nʼobubaane ku bifo ebigulumivu, ku nsozi waggulu, ne wansi wa buli muti.
”Mu mwaka ogwʼekkumi nʼebiri ogwʼobufuzi bwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya mutabani wa Era nʼafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, nʼafugira emyaka mwenda. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, naye tebyenkana nga bassekabaka ba Isirayiri bye baakola.
”Mu mwaka ogwokusatu ogwʼobufuzi bwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isirayiri, Keezeekiya mutabani wa Akazi kabaka wa Yuda, nʼatandika okufuga. Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, we yatandikira okufuga, nʼafugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi, nʼerinnya lya nnyina ye yali Abi muwala wa Zekkaliya. Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. Nʼaggyawo ebifo ebigulumivu nʼamenyaamenya amayinja amoole, nʼatema nʼempagi eza Baasera. Nʼamenyaamenya omusota ogwʼekikomo Musa gwe yakola, kubanga ne mu biro ebyo Abayisirayiri baagwoterezangako obubaane. Keezeekiya yeesiga Mukama, Katonda wa Isirayiri, ne wataba nʼomu eyamwenkana ku bakabaka bonna aba Yuda mu abo abaamusooka ne mu abo abamuddirira. Nʼanywerera ku Mukama, nʼataleka kumugoberera, era nʼakuuma nʼamateeka Mukama ge yawa Musa.
”Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda nʼaweereza obubaka eri kabaka wʼe Bwasuli e Lakisi ngʼagamba nti, “Nnyonoonye mu maaso go; ddayo ondeke. Nnaakusasula byonna byʼononsalira.” Kabaka wʼe Bwasuli nʼawooza ku Keezeekiya kabaka wa Yuda ttani kkumi eza ffeeza ne ttani emu eya zaabu. Keezeekiya nʼamuwa ffeeza yonna eyali mu yeekaalu ya Mukama nʼeyo eyali mu mawanika agʼomu lubiri. Mu kiseera ekyo Keezeekiya kabaka wa Yuda nʼaggyako zaabu gwe yali atadde ku nzigi ne ku minyolo egya yeekaalu ya Mukama, nʼamuwa kabaka wʼe Bwasuli.
”Keezeekiya nʼayaniriza ababaka abaleeta ebbaluwa, nʼabalambuza amawanika ge gonna omwali ebyʼomuwendo ebingi ngʼeffeeza, ne zaabu, nʼebyakaloosa nʼamafuta agʼomuwendo omungi. Yabalambuza ennyumba omwali ebyokulwanyisa, nʼebyʼomuwendo ebirala ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu mu lubiri wadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya kyʼataabalaga. Awo nnabbi Isaaya nʼagenda eri Kabaka Keezeekiya nʼamubuuza nti, “Abasajja abo bagambye ki era bavudde wa?” Keezeekiya nʼaddamu nti, “Bavudde mu nsi eyʼewala mu Babulooni.” Nnabbi nʼamubuuza nti, “Balabye ki mu lubiri lwo?” Nʼaddamu nti, “Balabye buli kintu mu lubiri lwange, tewali na kimu ku byʼomu mawanika gange kye nabakwese.” Isaaya nʼagamba Keezeekiya nti, “Wuliriza ekigambo kya Mukama: Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bwʼayogera Mukama.
”Manase yatandika okufuga ngʼalina emyaka kkumi nʼebiri, era nʼafugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Kefuziba. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, ngʼatambulira mu makubo amabi agʼamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gʼAbayisirayiri. Yaddamu nʼazimba ebifo ebigulumivu ebyʼokusamira, Keezeekiya kitaawe bye yali amenye: era yazimba nʼebyoto ebya Baali, nʼasimba nʼempagi kya Asera, nga Akabu kabaka wa Isirayiri bwe yakola, nʼokusinza nʼasinza eggye eryʼomu ggulu. Yazimba nʼebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yali ayogeddeko nti, “Mu Yerusaalemi mwe mulibeera Erinnya lyange.” Era yazimbira eggye lyonna eryʼomu ggulu ebyoto mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. Nʼawaayo mutabani we okuba ekyokebwa, ngʼakola ebyʼobufumu nʼebyʼobulogo, ate ngʼalagulwa nʼabaliko emizimu, nʼabalogo. Nʼakola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era nʼamusunguwaza. Yaddira ekifaananyi ekyole ekya Asera nʼakiteeka mu yeekaalu, Mukama gye yali ayogeddeko ngʼagamba Dawudi ne mutabani we Sulemaani nti, “Mu Yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi, bye nneeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga erinnya lyange emirembe gyonna.
”Ate, era Manase yayiwa omusaayi mungi gwʼabo abataaliko musango, nʼagujjuza Yerusaalemi, obutasaako ebibi ebirala bye yayonoonyesa Yuda, ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama.
”Amoni lwe yatandika okufuga, yali awezezza emyaka amakumi abiri mu ebiri, era nʼafugira mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri. Nnyina ye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi owʼe Yotuba. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola. Nʼatambulira mu ngeri za kitaawe, nʼasinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga. Yava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, nʼatatambulira mu kkubo lya Mukama.
”Yosiya nʼatandika okufuga nga wa myaka munaana, era nʼafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu gumu, ngʼerinnya lya nnyina ye Yedida, muwala wa Adaya owʼe Bozukasi. Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, ngʼatambulira mu ngeri za jjajjaawe Dawudi, awatali kutaaganaaga.
”Awo Kirukiya kabona asinga obukulu nʼategeeza Safani omuwandiisi nti, “Ekitabo ekyʼAmateeka nkizudde we kibadde mu yeekaalu.” Nʼakiwa Safani nʼakisoma. Safani omuwandiisi nʼaddayo eri kabaka nʼamugamba nti, “Abakungu bawaddeyo ensimbi ezibadde mu yeekaalu ya Mukama era bazikwasizza abakozi nʼabalabirizi abʼomulimu okuzikozesa nʼokulabirira enkozesa yaazo.” Ate era Safani omuwandiisi nʼategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona, ampadde ekitabo.” Awo Safani nʼakisomera kabaka. Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyasomebwa okuva mu Kitabo ekyʼAmateeka nʼayuza ebyambalo bye. Nʼalagira Kirukiya kabona, Akikamu mutabani wa Safani, ne Akubooli mutabani wa Mikaaya, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka nti, “Mugende mumbuulize eri Mukama, nze, nʼabantu bange ne Yuda yonna ku bigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ekizuuliddwa. Obusungu bwa Mukama bungi nnyo gye tuli olwa bajjajjaffe obutawuliriza bigambo ebyʼomu kitabo kino, era tebaakola ngʼebyawandiikibwa bino bwe bitugamba.”
”Yamenyaamenya nʼebyoto bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye ku kasolya okumpi nʼekisenge ekya waggulu ekya Akazi, era nʼebyoto Manase bye yali azimbye mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. Byonna yabiggyayo, nʼabimenyaamenya, enfuufu yaabyo nʼagiyiwa mu kiwonvu ekya Kiduloni. Era kabaka nʼayonoona nʼebifo ebigulumivu ebyali ebuvanjuba wʼe Yerusaalemi ku luuyi olwa bukiikaddyo ku lusozi olwʼokuzikirira, ebyo Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yazimbira bakatonda abʼomuzizo: Asutoleesi katonda omukazi owʼAbasidoni, ne Kemosi owʼAbamowaabu, ne Mirukomu owʼAbamoni. Nʼamenyaamenya empagi, nʼatemaatema empagi za Asera era ebifo ebyo nʼabijjuza amagumba gʼabantu.
”Ate era nʼabafumu, nʼaboogeza emizimu, nʼebifaananyi, nʼebyʼemizizo byonna ebyali mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Yosiya, nʼabiwera. Ekyo yakikola okutuukiriza ebigambo ebyʼetteeka eryali mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu Yeekaalu ya Mukama. Era tewali kabaka eyasooka Yosiya wadde eyamuddirira eyamufaanana era eyakyukira Mukama nʼomutima gwe gwonna, nʼemmeeme ye yonna era nʼamaanyi ge gonna, ngʼagoberera Amateeka ga Musa. Kyokka Mukama nʼatakendeeza ku busungu bwe obungi obwabuubuukira ku Yuda, olwʼebikolwa byonna ebya Manase ebyaleetera Mukama okusunguwala.
”Yekoyakaazi we yaliira obwakabaka yalina emyaka amakumi abiri mu esatu, era nʼafugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya owʼe Libuna. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama nga bajjajjaabe bwe baakola.
”Yekoyakimu we yafuukira kabaka yali awezezza emyaka amakumi abiri mu etaano, era nʼafugira mu Yerusaalemi okumala emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya owʼe Luuma. Naye nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe be bwe baakola.
”Yekoyakini we yafuukira kabaka yalina emyaka kkumi na munaana, era nʼafugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani owʼe Yerusaalemi. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola.
”Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza nʼatwala ebyʼobugagga byonna okuva mu yeekaalu ya Mukama, nʼokuva mu lubiri lwa kabaka, era nʼatemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ngʼabitadde mu yeekaalu ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira. Nʼatwala Yerusaalemi kyonna, nʼabakungu bonna, nʼabasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna nʼabaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ngʼomutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka. Nebukadduneeza nʼatwala Yekoyakini e Babulooni nga musibe okuva mu Yerusaalemi, era nʼatwala ne nnyina, ne bakyala ba kabaka, nʼabakungu be, nʼabaami abaali abʼekitiibwa mu nsi. Ate era yawamba abasajja abʼamaanyi kasanvu, ne baffundi nʼabaweesi lukumi, bonna nʼabatwala e Babulooni nga basibe.
”Zeddekiya we yafuukira kabaka yalina emyaka amakumi abiri mu gumu, era nʼafugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya owʼe Libuna. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakini bwe yakola. Ebyo byonna ebyatuuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, byabaawo olwʼobusungu bwa Mukama obwababubuukirako, era nʼoluvannyuma nʼabagoba mu maaso ge. Naye oluvannyuma Zeddekiya yʼajeemera kabaka wʼe Babulooni.
”Ne bawamba kabaka, ne bamuleeta eri kabaka wʼe Babulooni e Libula gye yasalirwa omusango. Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, nʼatwalibwa e Babulooni.
”Bwʼatyo Sawulo nʼafa olwʼobutaba mwesigwa eri Mukama, nʼobutakwata kigambo kya Mukama, ate nʼokulagulwa omusamize nʼamwebuuzaako, mu kifo kyʼokwebuuza ku Mukama. Mukama kyeyava atta Sawulo nʼobwakabaka nʼabuwa Dawudi mutabani wa Yese.
”Isirayiri yenna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba tuli ba mubiri gwo, na musaayi gwo. Mu biro ebyʼedda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo nʼakugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”
”“Naye ate Mukama Katonda wa Isirayiri yannonda mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna. Yalonda Yuda okuba omukulembeze, ne mu nnyumba ya Yuda nʼalondamu ennyumba ya kitange, ne mu batabani ba kitange nʼasiima okunfuula kabaka wa Isirayiri yenna. Mu batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gwalonze okutuula ku ntebe eyʼobwakabaka bwa Mukama mu Isirayiri.
”Yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo yʼalizimba ennyumba yange nʼempya zange, kubanga mmulonze okuba omwana wange, era nange nʼabeeranga kitaawe. Ndinyweza obwakabaka bwe emirembe gyonna, bwatalirekayo okugondera ebiragiro byange nʼamateeka gange nga bwe bigobelerwa mu nnaku zino.’ “Kaakano nkukuutira mu lujjudde lwonna olwa Isirayiri, ekuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ngʼawulira, nti weekuume okugondera ebiragiro ebya Mukama Katonda wo, olyoke olye ensi eno ennungi era (nʼabazzukulu) nʼabaana abʼobusika bwo bagisikirenga emirembe gyonna.
”Dawudi mutabani wa Yese yali kabaka wa Isirayiri yenna. Yafugira Isirayiri okumala emyaka amakumi ana, nga musanvu yagifugira e Kebbulooni, nʼemirala amakumi asatu nʼagifugira mu Yerusaalemi. Nʼafa ngʼakaddiye nnyo, ngʼajjudde essanyu olwʼemyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we nʼamusikira.
”Sulemaani mutabani wa Dawudi nʼatebenkera ku bwakabaka bwe, kubanga Mukama Katonda we yali wamu naye, era nʼamugulumiza nnyo. Awo Sulemaani nʼayita Isirayiri yonna, nʼatumya abaduumizi bʼenkumi nʼabʼebikumi, nʼabalamuzi, nʼabakadde bonna mu Isirayiri yonna, nʼabakulembeze bʼennyumba za bajjajjaabwe. Sulemaani nʼekibiina kyonna ne bagenda e Gibyoni eyali ekifo ku lusozi awaali Eweema ya Katonda eyʼOkusisinkanirangamu, Musa omuweereza wa Mukama gye yakuba, eyo mu ddungu. Naye Dawudi yali aggye essanduuko ya Katonda okuva e Kiriyasuyalimu, nʼagitwala e Yerusaalemi gye yali agitegekedde ngʼagizimbidde eweema.
”Awo Sulemaani nʼayimirira mu maaso gʼekyoto kya Mukama mu maaso gʼekibiina kyonna ekya Isirayiri, nʼayimusa emikono gye. Yali akoze ekituuti ekyʼekikomo, ekyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu nʼobugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu, nʼobugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, era ngʼakitadde wakati mu luggya olwʼebweru era kye yali ayimiriddeko. Nʼafukamira mu maaso gʼekibiina kyonna ekya Isirayiri, nʼayimusa emikono gye eri eggulu. Nʼayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri tewali Katonda akufaanana mu ggulu newaakubadde ku nsi, atuukiriza endagaano ye eyʼokwagala eri abaddu be abatambulira mu maaso ge nʼemitima gyabwe gyonna.
”Awo Sulemaani bwe yamaliriza esaala ye, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka era nʼekitiibwa kya Mukama ne kijjula eyeekaalu. Bakabona ne batayinza kuyingira mu yeekaalu ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula eyeekaalu ya Mukama. Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, nʼekitiibwa kya Mukama nga kiri ku yeekaalu, ne bavuunama ku lubalaza ngʼamaaso gaabwe gatunudde wansi ne basinza era ne beebaza Mukama nga boogera nti, “Mulungi, era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Awo kabaka nʼabantu bonna, ne baweerayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama. Kabaka Sulemaani nʼawaayo ssaddaaka eyʼente ezawera emitwalo ebiri, nʼendiga nʼembuzi emitwalo kkumi nʼebiri. Awo kabaka nʼabantu bonna ne bawonga eyeekaalu ya Mukama.
”Mukama nʼamulabikira mu kiro nʼamugamba nti, “Mpulidde okusaba kwo, era neerobozza gye ndi ekifo kino okuba eyeekaalu eyʼokuweerangamu ssaddaaka.” “Bwe nnaggalangawo eggulu enkuba ne tatonnya, oba ne ndagira enzige okulya ensi oba ne nsindikira abantu bange kawumpuli, abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.
”Kabaka Lekobowaamu ne yeenyweza mu Yerusaalemi, nʼafuga nga ye kabaka. Yalina emyaka amakumi ana mu gumu we yafuukira kabaka, era nʼafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri nʼateekamu Erinnya lye. Nnyina erinnya lye ye yali Naama Omwamoni. Lekobowaamu nʼakola ebibi, nʼatamalirira kunoonya Mukama mu mutima gwe.
”Abiya nʼabasajja be ne batta bangi nnyo ku Bayisirayiri, ne waba emitwalo amakumi ataano ku abo abaafa.
”Yerobowaamu nʼataddamu nate kuba na buyinza mu mirembe gya Abiya, Mukama nʼalwaza Yerobowaamu nʼafa.
”Asa nʼakola ebyali ebirungi nga bituufu mu maaso ga Mukama Katonda we. Nʼaggyawo ebyoto ebyʼabannamawanga nʼebifo ebigulumivu, era nʼamenyaamenya empagi, nʼebifaananyi bya Asera nʼabitemaatema. Nʼalagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabe, era nʼokukuuma amateeka ge nʼebiragiro bye. Era nʼaggyawo ebifo ebigulumivu nʼebyoto ebyʼobubaane mu bibuga byonna ebya Yuda, nʼobwakabaka ne buba nʼemirembe mu bufuzi bwe.
”Newaakubadde nga teyaggyawo bifo ebigulumivu mu Isirayiri, Asa yamalirira mu mutima gwe okunywerera ku Mukama ennaku ze zonna.
”Awo Asa nʼanyiigira nnyo omulabi, nʼamuteeka ne mu kkomera. Mu kiseera kye kimu Asa nʼayisa bubi nnyo abantu abamu.
”Mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu mwenda ogwʼobufuzi bwe, Asa nʼalwala ebigere. Newaakubadde ngʼobulwadde bweyongera, teyanoonyanga buyambi okuva eri Mukama, yabunoonyanga mu basawo bokka.
”Mukama nʼabeera wamu ne Yekosafaati kubanga mu buto bwe yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yatambulirangamu. Teyeebuuza ku Babaali, naye yanoonya Katonda wa kitaawe, era nʼagoberera amateeka ge okusinga engeri za Isirayiri. Mukama nʼanyweza obwakabaka mu mukono gwe, era Yuda yenna ne baleetera Yekosafaati ebirabo, nʼaba nʼobugagga bungi nʼekitiibwa kinene. Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama, nʼokuggyawo nʼaggyawo ebifo ebigulumivu nʼebifaananyi bya Baasera mu Yuda.
”Mikaaya nʼayongerako na bino nti, “Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama: Nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe ye eyʼobwakabaka nʼeggye lyonna eryʼomu ggulu nga liyimiridde okumwetooloola ku mukono gwe ogwa kkono. Awo Mukama nʼabuuza nti, ‘Ani anasendasenda Akabu kabaka wa Isirayiri okulumba Lamosugireyaadi nʼoluvannyuma afiire eyo?’ “Omu ku bo nʼateesa kino, nʼomulala kiri. Ku nkomerero, omwoyo ogumu ne gusembera, ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nzija kumusendasenda.’ “Mukama nʼagubuuza nti, ‘Ekyo onookikola otya?’ “Ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda, mbeere omwoyo omulimba mu kamwa ka buli nnabbi we.’ “Mukama nʼagugamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda, era genda okole bwʼotyo.’ “Kale nno Mukama atadde omwoyo ogwʼobulimba mu kamwa ka bannabbi bo, era Mukama akwogeddeko kabi keereere.”
”Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana nʼasembera okumpi ne Mikaaya we yali nʼamukuba oluyi mu maaso, nʼamubuuza nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko wa okwogera naawe?” Mikaaya nʼamuddamu nti, “Laba, ekyo olikimanya ku lunaku lwʼoligenda okwekweka mu kisenge ekyʼomunda.” Awo kabaka wa Isirayiri nʼalagira nti, “Mukwate Mikaaya mumuzzeeyo ewa Amoni ewʼomukulu wʼekibuga nʼewa Yowaasi omulangira, mwogere nti, ‘Bwʼati bwʼayogera kabaka nti, Omuntu ono mumuteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono nʼamazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo mirembe.’ ” Awo Mikaaya nʼalangirira nti, “Bwʼolikomawo mirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze,” ate nʼayongerako na kino nti, “Mmwe mwenna, mwekuume ebigambo byange.”
”Naye omu ku basajja nʼamala ganaanuula omutego gwe, nʼalasa kabaka wa Isirayiri mu kifo ekimu ebyambalo bye ebyʼolutalo we byegattira. Kabaka nʼagamba omugoba wʼeggaali lye nti, “Kyusa onzigye mu lutalo kubanga nfumitiddwa.” Olutalo ne lukanya olunaku lwonna, kyokka kabaka wa Isirayiri ne yeewaliriza okusigala mu gaali lye ngʼatunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ngʼegwa nʼafa.
”Bwe waayitawo ebbanga, Yekosafaati kabaka wa Yuda nʼakola endagaano ne Akaziya kabaka wa Isirayiri, omukozi wʼebibi. Nʼateesa naye okuzimba ebyombo ebyamaguzi biseeyeeyenga okugenda e Talusiisi, era ne babizimbira mu Eziyonigeba. Mu kiseera ekyo Eryeza mutabani wa Dodavaku owʼe Malesa nʼayogera ebyobunnabbi eri Yekosafaati ngʼagamba nti, “Kubanga okoze endagaano ne Akaziya, nʼomwegattako, Mukama alizikiriza byʼokoze.” Era ebyombo ne bimenyekamenyeka, ne bitasobola kugenda Talusiisi.
”Yekolaamu yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri we yafuukira kabaka, era nʼafugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. Nʼatambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri, ngʼennyumba ya Akabu bwe yakolanga, era nʼokuwasa nʼawasa muwala wa Akabu. Nʼakola ebyʼebibi mu maaso ga Mukama.
”Awo Mukama nʼasitusa obusungu bwʼAbafirisuuti nʼAbawalabu abaabeeranga okumpi nʼAbaesiyopiya eri Yekolaamu, ne balumba Yuda, ne bakiwangula, ne batwala ebintu byonna ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne batabani be, ne bakazi be, ne wataba mutabani we nʼomu eyalekebwa okuggyako Yekoyakaazi, omuggalanda. Oluvannyuma lwʼebyo byonna, Mukama nʼaleetako Yekolaamu obulwadde obutawonyezeka obwʼomu lubuto. Awo ebiro bwe byayitawo, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bitanula okumuvaamu, olwʼobulwadde, nʼafa mu bulumi bungi. Abantu be ne batamukumira lumbe, nga bwe baali bakoledde bajjajjaabe.
”Akaziya yalina emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatandika okufuga, era nʼafugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli. Ne Akaziya nʼatambulira mu makubo agʼennyumba ya Akabu, kubanga nnyina yamupikirizanga okukola ebibi. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, ngʼennyumba ya Akabu bwe yakola, kubanga oluvannyuma olwʼokufa kwa kitaawe be baamuwabyanga, okukola ebikyamu.
”Nʼoluvannyuma nʼanoonya Akaziya, era abasajja be ne bamuwambira e Samaliya gye yali yeekwese, nʼaleetebwa ewa Yeeku nʼattibwa. Ne bamuziika nga boogera nti, “Ono ye muzzukulu wa Yekosafaati, eyanoonya Mukama, nʼomutima gwe gwonna.” Era mu nnyumba ya Akaziya ne wataba nʼomu eyayinza okusikira obwakabaka.
”Naye Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lwʼabantu nga badduka era nga batendereza kabaka, nʼagenda gye bali mu yeekaalu ya Mukama. Nʼatunula, laba, kabaka ngʼayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, nʼabakungu nʼabafuuwa amakondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga nʼabantu bonna abʼensi nga basanyuka nga bafuuwa nʼamakondeere, nʼabayimbi nga bakutte ebivuga byabwe nga bakulembedde okujaguza. Awo Asaliya nʼayuza ebyambalo bye, nʼaleekaanira waggulu nti, “Bujeemu! Bujeemu!”
”Awo Yekoyaada nʼakola endagaano wakati we nʼabantu bonna era ne kabaka, nti baliba bantu ba Mukama. Abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali ne balimenyaamenya, ne bamenyaamenya nʼebyoto bye nʼebifaananyi bye, era ne battira ne Matani kabona wa Baali mu maaso gʼebyoto bya Baali. Awo Yekoyaada nʼassaawo abanaalabiriranga yeekaalu ya Mukama, era nʼalonda bakabona nʼAbaleevi Dawudi be yali awadde obuvunaanyizibwa obwʼokuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bajaguza era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira.
”Yowaasi yalina emyaka musanvu we yafuukira kabaka, era nʼafugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi nʼerinnya lya nnyina ye yali Zebbiya owʼe Beeruseba. Yowaasi nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama mu biro byonna ebya Yekoyaada kabona.
”Awo Omwoyo wa Katonda nʼakka ku Zekkaliya muzzukulu wa Yekoyaada, nʼayimirira mu maaso gʼabantu nʼayogera nti, “Bwʼati bwʼayogera Katonda nti, ‘Lwaki mujeemera amateeka ga Mukama? Temujja kufuna mukisa kukulaakulana. Kubanga muvudde ku Mukama naye kyavudde abaleka.’ ” Naye ne basala olukwe okutta Zekkaliya, kabaka nʼalagira nʼakubibwa amayinja, nʼafiira mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama. Kabaka Yowaasi nʼatajjukira kisa Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya kye yamulaga, nʼatta mutabani we. Zekkaliya bwe yali ngʼafa nʼayogera nti, “Mukama kino akirabe, era akuvunaane.”
”Amaziya yalina emyaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka, era nʼafugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekoyadaani owʼe Yerusaalemi. Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, naye si na mutima ogutuukiridde.
”Okuva mu kiseera, Amaziya lwe yakyuka okuva ku Mukama, baamusalira olukwe mu Yerusaalemi, nʼaddukira e Lakisi. Kyokka ne bamusindikira abasajja abaamugoberera okutuuka e Lakisi, era ne bamuttira eyo.
”Uzziya yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga we yaliira obwakabaka, nʼafugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekkiriya owʼe Yerusaalemi. Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yasooka okukola. Nʼamalirira okunoonya Katonda mu biro bya Zekkaliya eyamubuuliriranga okutya Katonda. Era ebbanga lyonna lye yanoonya Mukama, Katonda nʼamuwa omukisa.
”Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, nʼokugwa nʼagwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, nʼokuyingira nʼayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto ekyʼobubaane. Azaliya kabona ne bakabona ba Mukama abalala abazira kinaana ne bagenda gyʼali, ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.” Awo Uzziya nʼasunguwala ngʼakyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ngʼasunguwalidde bakabona ngʼayimiridde ku mabbali gʼekyoto ekyʼobubaane mu yeekaalu ya Mukama, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna. Awo Azaliya kabona asinga obukulu ne bakabona abalala bwe bamutunuulira, ne balaba ngʼakwatiddwa ebigenge mu kyenyi kye ne banguwa okumufulumya ebweru. Ate era naye yennyini nʼayagala okufuluma kubanga Mukama yali amukubye omuggo. Kabaka Uzziya nʼaba mugenge okutuusa lwe yafa, ngʼabeera mu nnyumba eyayawulibwa ku ndala zonna olwʼobugenge bwe, nga nʼobuvunaanyizibwa bwonna bumuggyibbwako, ate era nga takkirizibwa kuyingira mu yeekaalu ya Mukama. Yosamu mutabani we nʼatwala obuvunaanyizibwa obwʼolubiri nʼafuga abantu abʼeggwanga.
”Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, bwe yalya obwakabaka, nʼafugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na mukaaga. Nnyina ye yali Yerusa muwala wa Zadooki. Newaakubadde ngʼabantu beeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, Yosamu yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola; naye obutafaanana nga kitaawe bwe yakola, teyayingira mu yeekaalu ya Mukama.
”Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yaliira obwakabaka, nʼafugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Naye obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi, yakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama. Nʼatambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri, nʼokukola nʼakola ebifaananyi ebisaanuuse ebyakozesebwanga mu kusinza Baali. Nʼayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, nʼawaayo batabani be okuba ebiweebwayo ebyokebwa, ngʼagoberera emizizo gyʼabannaggwanga, Mukama be yagoba mu maaso gʼAbayisirayiri.
”Mu kiseera ekyo kabaka Akazi we yalabira ennyo ennaku, yeeyongera obutaba mwesigwa eri Mukama. Nʼawangayo ssaddaaka eri bakatonda bʼe Ddamasiko, abaali bamuwangudde, kubanga yalowooza nti, “Engeri bakatonda ba bakabaka bʼe Busuuli bwe babayambye, nnaawaayo ssaddaaka gye bali, nange bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe nʼokwa Isirayiri yenna. Akazi nʼakuŋŋaanya ebintu ebyʼomu yeekaalu ya Katonda, nʼabiggyamu, nʼaggalawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, ne yeezimbira ebyoto mu buli nsonda mu Yerusaalemi. Mu buli kibuga kya Yuda nʼazimbamu ebifo ebigulumivu okuwerangayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, nʼasunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
”Keezeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka; nʼafugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Abiya muwala wa Zekkaliya. Keezeekiya nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. Mu mwaka gwe ogwasooka, mu mwezi ogwʼolubereberye, nʼaggulawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, nʼaziddaabiriza.
”Awo Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi ne basaba nga bakaabira eri eggulu ku nsonga eyo. Mukama nʼatuma malayika, nʼatemaatema abasajja abalwanyi abazira abʼamaanyi bonna nʼabaduumizi, nʼabakungu mu nkambi ya kabaka wʼe Bwasuli. Sennakeribu nʼaddayo mu nsi ye ngʼensonyi zimukutte. Bwe yayingira mu yeekaalu ya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutta nʼekitala. Awo Mukama nʼalokola Keezeekiya nʼabantu ba Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka wʼe Bwasuli ne mu mukono gwʼabalabe baabwe bonna abalala. Nʼabaakuumanga enjuuyi zonna. Bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, ne Keezeekiya kabaka wa Yuda nʼafuna ebirabo ebyʼomuwendo omungi. Nʼokuva ku lunaku olwo nʼaweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna.
”Naye mu bigambo ebyʼababaka abaatumibwa abakungu bʼe Babulooni okumubuuza ku byamagero ebyakolebwa mu nsi ye, Katonda nʼamugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.
”Manase yalya obwakabaka nga wa myaka kkumi nʼebiri, nʼafugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. Nʼakola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, ngʼagoberera ebikolwa ebyʼekivve ebyʼamawanga Mukama ge yagoba mu maaso gʼAbayisirayiri. Nʼaddaabiriza ebifo ebigulumivu kitaawe Keezeekiya bye yali amenyeemenye, nʼazimbira ne Baali ebyoto, nʼakola ne Baasera, nʼasinza era nʼaweereza nʼeggye lyonna eryʼoku ggulu. Nʼazimba ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yayogerako nti, “Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.” Nʼazimba ebyoto ebyʼokusinzizangako eggye lyonna eryʼoku ggulu, mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. Nʼawaayo abaana be ngʼekiweebwayo, nʼabookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, nʼakola ebyʼobufumu, nʼalagulira mu bire, nʼakola ebyʼobulogo, nʼagendanga nʼeri abaliko emizimu ne ddayimooni. Nʼakola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, nʼasunguwaza nnyo Mukama. Nʼaddira ekifaananyi ekyole kye yakola, nʼakiteeka mu yeekaalu ya Katonda, Katonda gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi muno, bye nalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga Erinnya lyange emirembe gyonna. Sijjululenga nate kigere kya Isirayiri okuva mu nsi gye nawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola bye mbalagidde, nga bagoberera amateeka gonna, nʼebiragiro, nʼobulombolombo bye nnawa Musa.” Naye Manase nʼasendasenda Yuda nʼabantu bʼe Yerusaalemi okukola ebitaali bya butuukirivu okusinga amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso gʼAbayisirayiri.
”Mukama nʼayogera ne Manase nʼabantu be, kyokka ne batassaayo mwoyo. Mukama kyeyava abasindikira abaduumizi bʼeggye lya kabaka wʼe Bwasuli, ne basiba Manase mu njegere ne mu masamba, ne bamutwala e Babulooni nga musibe. Ngʼali eyo mu nnaku ye, ne yeegayirira Mukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. Nʼamusaba, Mukama nʼawulira okwegayirira kwe, nʼamukomyawo e Yerusaalemi nʼeri obwakabaka bwe. Awo Manase nʼategeera nga Mukama ye Katonda.
”Nʼaggyamu bakatonda abamawanga nʼekifaananyi ekyole mu yeekaalu ya Mukama, nʼebyoto byonna bye yazimba ku kasozi ka yeekaalu ne mu Yerusaalemi, nʼabisuula ebweru wʼekibuga. Nʼaddaabiriza ekyoto kya Mukama, nʼaweerayo ssaddaaka ezʼebiweebwayo olwʼemirembe nʼezʼokwebaza, nʼalagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isirayiri. Wabula abantu bo, ne beeyongera okuweerangayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, nga baziwaayo eri Mukama Katonda waabwe.
”Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka. Nʼakola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, nga Manase kitaawe bwe yakola. Naye obutafaanana nga kitaawe Manase, Amoni nʼayongera ekibi ku kibi, nʼateetoowaza mu maaso ga Mukama.
”Yosiya yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, era nʼafugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi. Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nʼatambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, nʼakwata ekkubo lya Mukama eggolokofu. Mu mwaka ogwʼomunaana ogwʼokufuga kwe, ngʼakyali muto, nʼatandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe, era mu mwaka ogwʼekkumi nʼebiri nʼatandika okuggya ebifo ebigulumivu, ne Baasera, nʼebifaananyi ebyole, nʼebifaananyi ebisaanuuse mu Yuda ne mu Yerusaalemi. Nʼalagira bamenyeemenye ebyoto bya Baali, nʼatemaatema ebyoto kwe baayoterezanga obubaane ebyali waggulu waabyo, nʼamenyaamenya ne Baasera, nʼebifaananyi ebyole, nʼebifaananyi ebisaanuuse; nʼabisesebbula, enfuufu yaabyo nʼagimansula ku malaalo gʼabo abaaweerangayo ssaddaaka.
”Awo Kirukiya kabona nʼagamba Safani omuwandiisi nti, “Nzudde ekitabo ekyʼamateeka mu yeekaalu ya Mukama.” Nʼakiwa Safani. Safani nʼakitwalira kabaka, nʼamutegeeza ne ku byʼomulimu ngʼagamba nti, “Byonna abaddu bo bye baalagirwa babikola. Ensimbi ezaali mu yeekaalu ya Mukama ziweereddwa abalabirira nʼabakozi.” Safani omuwandiisi nʼategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona ampadde ekitabo.” Awo Safani nʼakisomera kabaka. Kabaka bwe yawulira ebigambo byʼamateeka, nʼayuza ebyambalo bye. Nʼalagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani, ne Abudoni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuddu wa kabaka, ngʼayogera nti, “Mugende mumbulize ku Mukama, nze nʼabasigadde mu Isirayiri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo ebyʼomu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Mukama bungi nnyo nnyini era butubuubuukirako olwa bajjajjaffe abataagoberera kigambo kya Mukama okukikola nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino.”
”bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Laba ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu akabi, nʼebikolimo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo, ekyasomeddwa mu maaso ga kabaka wa Yuda. Kubanga banvuddeko ne bookera bakatonda abalala obubaane, era bansunguwazizza nʼemirimu gyonna egyʼemikono gyabwe. Kyennaava mbasunguwalira ne wataba nʼomu akkakkanya busungu bwange.” ’ Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okujja okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, “Kubanga omutima gwo gubadde mumenyefu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda, bwe wawulidde ebigambo bye, ebikwata ku kifo kino nʼabo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, nʼoyuza ebyambalo byo, nʼokaabira mu maaso gange, nkuwulidde.
”Kabaka nʼayimirira mu kifo kye, ne yeeyama mu maaso ga Mukama, okutambuliranga mu mpya za Mukama nʼokukwatanga amateeka ge, nʼebyo bye yategeeza, nʼebiragiro bye, nʼomutima gwe gwonna nʼomwoyo gwe gwonna, okutuukirizanga ebigambo ebyawandiikibwa mu kitabo. Oluvannyuma nʼalagira bonna abaali mu Yerusaalemi ne mu Benyamini okweyama. Abatuuze bʼomu Yerusaalemi ne bakola ngʼendagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe bwʼegamba. Yosiya nʼaggya ebyʼemizizo byonna ku butaka bwonna obwʼAbayisirayiri, nʼalagira bonna abaali mu Isirayiri okuweerezanga Mukama Katonda waabwe. Mu kufuga kwe kwonna, tebaava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
”Yekoyakaazi yali wa myaka amakumi abiri mu esatu bwe yalya obwakabaka, nʼafugira mu Yerusaalemi emyezi esatu.
”Yekoyakimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, nʼafugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. Nʼakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we.
”Yekoyakini yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, nʼafugira emyezi esatu nʼennaku kkumi mu Yerusaalemi. Nʼakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama.
”Awo omwaka bwe gwali nga gunaatera okuggwaako, kabaka Nebukadduneeza nʼamutumya, nʼaleetebwa e Babulooni nʼebintu byonna ebyʼomuwendo okuva mu yeekaalu ya Mukama. Nebukadduneeza nʼafuula Zeddekiya kitaawe omuto okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.
”Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu bwe yalya obwakabaka, nʼafugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. Nʼakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we, nʼateetoowaza mu maaso ga nnabbi Yeremiya, eyayogeranga ekigambo kya Mukama. Nʼajeemera ne kabaka Nebukadduneeza eyamulayiza mu maaso ga Katonda. Nʼakakanyaza ensingo ye nʼomutima gwe, nʼatakyuka kudda eri Mukama Katonda wa Isirayiri. Ate ne bakabona abakulu bonna nʼabantu, ne bataba beesigwa ne bagoberera ebyʼobukaafiiri ebyʼamawanga amalala, ne bagwagwawaza yeekaalu ya Mukama, gye yali atukuzizza mu Yerusaalemi.
”Naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda, ne banyoomanga nʼebigambo bye, ne basekereranga bannabbi be, okutuusa obusungu bwa Katonda bwe bwabuubuukira ku bantu be awatali kubasaasira. Kyeyava aweereza kabaka wʼAbakaludaaya okubalumba, nʼatta nʼekitala abavubuka baabwe mu nnyumba awasinzizibwa, nʼatalekaawo muvubuka nʼomu newaakubadde abawala abato, newaakubadde abasajja abakulu wadde abakadde ennyo. Bonna Katonda yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza. Ne yeetikka ebintu ebinene nʼebitono byonna okuva mu yeekaalu ya Katonda, nʼebyʼobugagga ebyʼomu yeekaalu ya Mukama, nʼamawanika ga kabaka nʼabakungu be. Ne bookya yeekaalu ya Katonda ne bamenyaamenya ne bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya nʼembiri zonna, ne bazikiriza nʼebintu ebyʼomuwendo byonna. Nʼabo abaawona ekitala, nʼabatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni, ne babeera baddu be nʼaba batabani be okutuusa ku kufuga kwʼobwakabaka bwʼObuperusi. Ensi nʼekuuma ssabbiiti zaayo, ekiseera kyonna kye yamala mu kubonaabona kwayo okutuusa emyaka ensanvu bwe gyagwako, ngʼekyo kituukiriza ekigambo Mukama kye yayogera mu Yeremiya.
”Mu mwaka ogwʼolubereberye ogwa Kuulo kabaka wa Buperusi, Mukama nʼakoma ku mutima gwa Kuulo kabaka wa Buperusi ngʼekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya bwe kyali, okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, nʼokuwandiika nti, “Bwʼatyo bwʼayogera Kuulo kabaka wa Buperusi nti, ‘Mukama Katonda wʼeggulu ampadde obwakabaka bwonna obwʼomu nsi, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe owʼoku bantu be, Mukama Katonda abeere naye, ayambuke.’ ”
”Awo mu mwaka ogwʼolubereberye ogwʼobufuzi bwa Kuulo kabaka wa Buperusi, ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya ne kituukirira, Mukama nʼakoma ku mutima gwa Kuulo kabaka wʼe Buperusi okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, nʼokukiteeka mu buwandiike nti, “Bwʼati bwʼayogera Kuulo kabaka wʼe Buperusi nti, ‘Obwakabaka bwonna obwʼomu nsi Mukama Katonda wʼeggulu abumpadde, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. Omuntu yenna mu mmwe abantu be, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi mu Yuda addaabirize yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, Katonda ali mu Yerusaalemi.
”Abakulu baffe beeyimirire olukuŋŋaana lwonna, na buli muntu awamu nʼabakadde nʼabalamuzi aba buli kibuga mu bibuga byaffe eyawasa omukazi omunnaggwanga, ajje mu kiseera ekiragaane alongoose ensonga eyo, okutuusa obusungu bwa Katonda waffe lwe bulituvaako olwʼekigambo ekyo.”
”Oluvannyuma lwʼebyo Kabaka Akaswero nʼakuza Kamani mutabani wa Kammedasa, Omwagaagi era nʼamusukkiriza nʼamuwa nʼentebe eyʼekitiibwa okusinga abakungu abalala bonna. Era abaddu ba Kabaka bonna abaabeeranga ku wankaaki wa Kabaka baamufukaamiriranga ne bamuwa ekitiibwa, kubanga kyali kiragiro ekyava eri Kabaka. Naye Moluddekaayi teyamufukaamirira wadde okumussaamu ekitiibwa. Awo abagalagala ba Kabaka abʼoku wankaaki ne babuuza Moluddekaayi nti, “Nsonga ki ekulobera okugondera ekiragiro kya Kabaka?” Buli lunaku baayogeranga naye ku nsonga eyo naye ye nʼagaana okubawuliriza. Ekyavaamu kwe kubuulira Kamani ku nsonga yʼemu, balabe oba Moluddekaayi anaakyusa ku nneeyisa ye, kubanga yali yabategeezaako nti Muyudaaya.
”Ne bayita abawandiisi ba Kabaka ku lunaku olwʼekkumi nʼessatu mu mwezi ogwʼolubereberye, ne bawandiika byonna nga Kamani bwe yalagira, ne bawandiikira abaamasaza ne bagavana ba buli kitundu, nʼabakungu ba buli ggwanga; era nʼeri buli kitundu ngʼempandiika yaakyo bwe yali, nʼeri buli ggwanga ngʼolulimi lwabwe bwe lwali; byawandiikibwa mu linnya lya Kabaka Akaswero era ne biteekebwako akabonero nʼempeta ya Kabaka. Ebbaluwa zaatwalibwa ababaka mu bitundu byonna ebya Kabaka nʼekiragiro, ekyʼokuzikiriza, nʼokutta nʼokumalawo Abayudaaya bonna, abato nʼabakadde, abaana abato nʼabakazi mu lunaku lumu olwʼekkumi nʼessatu mu mwezi ogwʼekkumi nʼebiri ogwa Adali, awamu nʼokunyaga ebyabwe byonna. Ebyaggyibwa mu kiwandiike ne biraalikibwa eri amawanga gonna, ekiragiro ne kirangirirwa mu buli kitundu, balyoke beeteekereteekere olunaku olwo. Awo ababaka ne banguwa okugenda olwʼekiragiro kya Kabaka, etteeka ne libuulirwa mu lubiri lwʼe Susani. Awo Kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kisasamala.
”Awo ku lunaku olwokusatu, Kabaka yali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka mu kisenge ekinene ekyolekera omulyango, Eseza nʼayambala ebyambalo bye ebyobwannabagereka, nʼayimirira mu luggya olwʼomunda olwokubiri okwolekera ekisenge ekyo ekinene. Kabaka bwe yalengera Nnabagereka Eseza ngʼayimiridde mu luggya, nʼaganja mu maaso ge era nʼamugololera omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza nʼasembera nʼakoma ku musa gwʼomuggo. Kabaka nʼalyoka amubuuza nti, “Oyagala ki Nnabagereka Eseza? Era kiki kyʼosaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu kyʼobwakabaka.”
”Ensi yaweebwayo mu mukono gwʼabakozi bʼebibi. Abikka ku maaso gʼabagiramula. Bwʼaba nga si Mukama, kale ani?
”Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga? Onoosalira abatuukirivu nʼoyo owʼamaanyi omusango?
”Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’ nʼabakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’
”Lwaki amawanga geegugunga nʼabantu ne bateganira obwereere okusala enkwe? Bakabaka abʼensi bakuŋŋaanye, nʼabafuzi ne bateeseza wamu ku Mukama ne ku Kristo we, nga bagamba nti, “Ka tukutule enjegere zaabwe, era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.” Naye Katonda oyo atuula mu ggulu, abasekerera busekerezi, nʼenkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
”Nʼabagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.” Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama: Kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange, olwaleero nkuzadde.” “Nsaba, nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo, era nʼensi yonna gyʼekoma okuba amatwale go.” “Olibafugisa omuggo ogwʼekyuma, era olibabetenta ngʼentamu yʼomubumbi.” Kale nno mubeere nʼamagezi mmwe bakabaka; muyige okulabulwa mmwe abafuzi bʼensi. Muweereze Mukama nga mumutya, era musanyuke nʼokukankana.
”Ababi balisuulibwa emagombe; ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda. Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna, era nʼababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna. Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula; leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go. Bakankanye nʼokutya, Ayi Mukama; amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.
”Mukama ye Kabaka emirembe nʼemirembe. Amawanga galizikirizibwa mu nsi ye.
”Mukama akebera abatuukirivu naye omutima gwe gukyawa ababi, nʼabakola ebyʼobukambwe.
”Ensi zonna zirijjukira ne zikyukira Mukama, ebika byonna ebyʼamawanga gonna birimuvuunamira. Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama, era yʼafuga amawanga gonna.
”Kabaka owʼekitiibwa oyo ye ani? Mukama Ayinzabyonna; oyo ye Kabaka owʼekitiibwa.
”Mukama asansulula enteekateeka yʼamawanga; alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera. Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna; nʼebigendererwa byʼomutima gwe bya lubeerera. Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo, ngʼabantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
”Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa. Ye Kabaka afuga ensi yonna. Yatujeemululira abantu, nʼatujeemululira amawanga ne tugafuga. Yatulondera omugabo gwaffe, Yakobo gwʼayagala mwe yeenyumiririza. Katonda alinnye waggulu ngʼatenderezebwa mu maloboozi agʼessanyu eringi. Mukama alinnye nga nʼamakondeere gamuvugira. Mutendereze Katonda, mumutendereze. Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze. Kubanga Katonda ye Kabaka wʼensi yonna, mumutendereze ne Zabbuli eyʼettendo. Katonda afuga amawanga gonna; afuga amawanga ngʼatudde ku ntebe ye entukuvu.
”Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu; era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
”nʼamakondeere nʼeddoboozi lyʼeŋŋombe. Muyimbe nʼessanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.
”Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama; ne bakabaka bonna abʼensi banaakankananga olwʼekitiibwa kyo.
”Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga, abafuzi ne bakola amateeka agʼobwenkanya. Abalangira bafuga ku bwange, nʼabakungu bonna abafuga ku nsi.
”Obutuukirivu buzimba eggwanga, naye ekibi kiswaza abantu abʼengeri zonna. Kabaka asanyukira omuddu akola ebyʼamagezi, naye obusungu bwa kabaka bunaabuubuukiranga ku oyo akola ebiswaza.
”Kabaka kyʼayogera kiba ngʼekiva eri Katonda, nʼakamwa ke tekasaanye kwogera bitali bya bwenkanya. Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama, ebipimo byonna ebikozesebwa yʼabikola. Kya muzizo bakabaka okukola ebibi, kubanga entebe ye eyʼobwakabaka enywezebwa butuukirivu. Akamwa akogera ebyʼamazima bakabaka ke basanyukira, era baagala oyo ayogera amazima. Obusungu bwa kabaka buli ngʼababaka abaleese okufa, omusajja owʼamagezi alibukkakkanya. Kabaka bwʼasanyuka kireeta obulamu; nʼokuganza kwe, kuli nga ekire ekyʼenkuba mu biseera ebya ttoggo.
”Omusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya, kale kiwulikika kitya ngʼomuddu afuga abalangira? Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala, era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza. Obusungu bwa kabaka buli ngʼokuwuluguma kwʼempologoma, naye ekisa kye kiri ngʼomusulo ku ssubi.
”Obusungu bwa kabaka buli ngʼokuwuluguma kwʼempologoma, nʼoyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.
”Kabaka bwʼatuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka ngʼasala emisango, amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.
”Omutima gwa kabaka guli ngʼamazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama, era agukyusiza gyʼayagala yonna.
”Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka, era teweetabanga na bajeemu. Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu era ani amaanyi akabi akalibatuukako?
”Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda, naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka. Ngʼeggulu bwe lyewanise waggulu ennyo nʼensi bwʼekka ennyo wansi, bwe gityo nʼemitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka. Effeeza giggyeemu ebisejja, olyoke ofune omuweesi kyʼanaakozesa. Ggyawo abakozi bʼebibi mu maaso ga kabaka, entebe ye eyʼobwakabaka eryoke enywezebwe mu butuukirivu. Teweekuzanga mu maaso ga kabaka, wadde okwewa ekifo mu bantu abʼekitiibwa. Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,” kisingako okukuswaza mu maaso gʼowʼekitiibwa.
”Ngʼempologoma ewuluguma oba eddubu eritiisatiisa, bwʼabeera omufuzi omubi atulugunya abateesobola. Omufuzi nantagambwako tafuga na bwenkanya, naye oyo akyawa amagoba agafuniddwa mu bukyamu alibeera nʼessanyu eryʼobulamu obuwangaazi.
”Abatuukirivu bwe bakulaakulana, abantu basanyuka, naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuga abantu babeera mu kusinda. Ayagala amagezi asanyusa kitaawe, naye munne wʼabamalaaya ayiwaayiwa obugagga bwe. Kabaka afuga nʼobwenkanya, abantu be baba mu butebenkevu, naye oyo alulunkanira enguzi, ensi agyonoona.
”Omufuzi bwʼawuliriza ebyʼobulimba, abakungu be bonna bafuuka babi. Omwavu nʼoyo amubonyaabonya balina ekibagatta: Mukama bombi ye yabawa amaaso. Kabaka bwʼasalira abaavu emisango nʼobwesigwa, obufuzi bwe bubeerera emirembe gyonna.
”Ggwe Lemweri, si kya bakabaka, si kya bakabaka okunywanga omwenge, so si kya balangira okwegombanga omwenge, si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka, ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.
”Nkugamba nti Gondera ekiragiro kya kabaka, kubanga walayira mu maaso ga Katonda. Toyanguyiriza kuva mu maaso ga kabaka. Kyokka ensonga bwʼebanga etali ntuufu, tobanga ku ludda lumuwakanya, kubanga ye akola buli kyʼayagala. Kubanga ekigambo kya kabaka kisukkuluma byonna; kale ani ayinza okumubuuza nti, “Okolaki ekyo?”
”Tokolimira kabaka mu mutima gwo newaakubadde okukolimira omugagga mu kisenge kyo, kubanga ennyonyi eyʼomu bbanga eyinza okwetikka ebigambo byo nga biwandiikiddwa ku biwaawaatiro byayo nʼebibatuusaako.
”Ensi yammwe esigadde matongo, ebibuga byammwe byokeddwa omuliro, nga nammwe bennyini mulaba. Bannamawanga balidde ensi yammwe, era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde. Omuwala wa Sayuuni alekeddwa ngʼensiisira esigadde mu nnimiro yʼemizabbibu, ngʼekiwummulirwamu mu nnimiro yʼemyungu, ngʼekibuga ekizingiziddwa. Singa Mukama owʼEggye teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo twandibadde nga Sodomu, twandifuuse nga Ggomola. Muwulirize ekigambo kya Katonda mmwe abafuzi ba Sodomu! Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffe mmwe abantu bʼe Ggomola!
”Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu; obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi. Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti nʼenkuŋŋaana zammwe zijjudde obutali butuukirivu. Emyezi gyammwe Egibonese nʼembaga zammwe ezʼennaku entukuvu, emmeeme yange ebikyaye, binfuukidde omugugu, nkooye okubigumiikiriza.
”Alisala enkaayana zʼamawanga, aliramula emisango gyʼabantu bangi, era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi, nʼamafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
”“Ebintu byonna abantu bano bye bayita enkwe, temubiyita nkwe, era temutya bye batya, wadde okutekemuka omutima.
”Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, nʼokufuga kunaabanga ku bibegabega bye. Nʼerinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi wʼamagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe owʼEmirembe Gyonna, Omulangira wʼEmirembe. Okufuga kwe nʼemirembe biryeyongeranga obutakoma. Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe, nʼokubuwanirira nʼobwenkanya nʼobutuukirivu okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Obumalirivu bwa Mukama Katonda owʼEggye bulikituukiriza ekyo.
”Ne Babulooni, ekitiibwa ekyʼobwakabaka, obulungi obwʼokwemanya kwʼAbakaludaaya, kiriba nga Sodomu ne Ggomola Katonda bye yawamba. Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna, so tekiribeerwamu emirembe nʼemirembe, so teri Muwalabu alisimbayo weema ye, teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo.
”oligera olugero luno ku kabaka wʼe Babulooni nʼoyogera nti: Omujoozi ngʼagudde nʼaggwaawo! Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo! Mukama Katonda amenye omuggo ogwʼabakozi bʼebibi, omuggo gwʼobwakabaka ogwʼabo abafuga.
”Ensi eyonooneddwa abantu baayo, bajeemedde amateeka, bamenye ebiragiro, ne bamenyawo nʼendagaano eyʼemirembe nʼemirembe. Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi; nʼabantu baayo bateekwa okusasula olwʼomusango ogwabasinga. Abatuuze bʼensi bayidde, Era abatono be basigaddewo.
”Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu, nʼabafuzi balifuga mu bwenkanya.
”Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama yʼatuwa amateeka, Mukama ye Kabaka waffe, yʼalitulokola.
”Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange era alituukiriza bye njagala byonna.’ Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’ ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ”
”“Bwʼati Mukama bwʼagamba Kuulo gwe yafukako amafuta, oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo okujeemulula amawanga mu maaso ge era nʼokwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe, okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso, emiryango eminene gireme kuggalwawo.
”Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira. Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.”
”Leero nkutaddewo okuba nʼobuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula nʼokumenya, okuzikiriza nʼokuwamba; okuzimba nʼokusimba.”
”Kubanga ennyumba ya Isirayiri nʼennyumba ya Yuda zifuukidde ddala njeemu gye ndi,” bwʼayogera Mukama.
”Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala, ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bwʼayogera Mukama. Ensi eyaguma eyʼedda, abantu abʼolulimi lwe mutamanyi aboogera bye mutategeera
”“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu, buli omu alulunkanira kufuna. Nnabbi ne kabona bonna boogera ebyʼobulimba.
”Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu, era Kabaka owʼemirembe gyonna. Bwʼasunguwala, ensi ekankana, amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.
”Naye eggwanga bwe litalissaayo mwoyo, ndirisiguukulula ne ndisaanyizaawo ddala,” bwʼayogera Mukama.
”Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, “Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ngʼomubumbi ono bwʼakoze?” bwʼayogera Mukama. “Okufaanana ngʼebbumba mu mukono gwʼomubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri. Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era nʼokuzikirizibwa, era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola. Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba, era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.”
”nʼabo bonna bakabaka abʼomu bukiikakkono, abeewala, nʼabʼokumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi. Oluvannyuma lwabo kabaka wʼe Sesaki naye balikinywa. “Era onoobagamba nti, ‘Bwʼatyo bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Munywe mutamiire, museseme, mugwe muleme kuddayo kusituka olwʼekitala ekyo kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.’
”Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi; enkuba eyʼamaanyi ejja kuva ku nkomerero yʼensi.” Mu kiseera ekyo abo abattiddwa Mukama bajja kubeera buli wamu okuva ku nsonda emu eyʼensi okutuuka ku ndala. Tebajja kukungubagirwa wadde okukuŋŋaanyizibwa oba okuziikibwa, naye banaaba ngʼobusa obulekeddwa ku ttaka. Mukaabe mulaajane mmwe abasumba, mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu bʼebisibo. Kubanga obudde bwammwe obwʼokuttibwa butuuse mujja kugwa mubetentebwe ngʼebibya ebyʼebbumba. Abasumba tebaabeeko na buddukiro, nʼabakulu bʼebisibo tebaabeeko na wa kwekweka. Muwulire okukaaba kwʼabasumba, okwaziirana kwʼabanannyini bʼebisibo, kubanga Mukama alizikiriza amalundiro gaabwe.
”Era munoonye emirembe nʼokukulaakulana kwʼekibuga gye mbatutte mu buwaŋŋanguse. Musabenga Mukama, ekibuga mukisabire kubanga bwe kikulaakulana nammwe mujja kukulaakulana.”
”Ennyondo yʼensi yonna ngʼekubiddwa nʼemenyeka! Babulooni kifuuse matongo mu mawanga!
”“Mudduke Babulooni. Mudduke okuwonya obulamu bwammwe. Temusaanawo olwʼebibi bye. Kiseera kya Mukama okwesasuza; alimusasula ekyo ekimusaanira. Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama; yatamiiza ensi yonna. Amawanga gaanywa wayini we, kyegavudde galaluka.
”Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire era ne yeenyweza nʼebigo bye ebyʼamaanyi, ndimusindikira abazikiriza,” bwʼayogera Mukama.
”Nditamiiza abakungu be nʼabasajja be abajjudde amagezi, ne bagavana, abʼebitongole awamu nʼabalwanyi; balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,” bwʼayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda owʼEggye. Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa era nʼemiryango gye emiwanvu gyokebwe; abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba, okutawaana kwʼeggwanga kuliba nku za muliro.”
”Ategeera ebiseera nʼebiro; assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka; awa amagezi abagezigezi, era nʼokumanyisa abo abategeevu.
”“Ekyo kye kyali ekirooto; kaakano tunaategeeza kabaka amakulu gaakyo. Ggwe, ayi kabaka, ggwe kabaka wa bakabaka, Katonda owʼeggulu gwe yawa obwakabaka, nʼobuyinza, nʼamaanyi, nʼekitiibwa; era akukwasizza abantu nʼensolo ezʼomu nsiko, nʼennyonyi ezʼomu bbanga. Buli we bibeera, akuwadde okubifuga, era ggwe mutwe ogwa zaabu. “Bwʼolivaawo, obwakabaka obulala buliddawo, obutenkanankana bubwo. Nʼoluvannyuma waliddawo obwakabaka obwokusatu nga bwa kikomo obulifuga ensi yonna. Oluvannyuma lwʼebyo byonna waliddawo obwakabaka obwokuna obuliba obwʼamaanyi ngʼekyuma; era ngʼekyuma ekimenyaamenya ne kibetentabetenta buli kintu, era ngʼekyuma bwe kimenyaamenya obutundutundu, bwe kityo bwe kiribetentabetenta ne kimenyaamenya obwakabaka obulala bwonna. Nga bwe walaba ebigere nʼobugere ekitundu nga kya bbumba eryʼomubumbi, nʼekitundu nga kya kyuma, bwe butyo obwakabaka bwe buligabanyizibwamu; ate nga bulisigala nʼamaanyi agʼekyuma, nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba. Ngʼobugere bwe bwali, ekitundu nga kya kyuma nʼekitundu ekirala nga kya bbumba, nʼobwakabaka buno buliba bwe butyo, ekitundu ekimu nga kyʼamaanyi nʼekitundu ekirala nga kinafu. Era nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba bwe batyo nʼabantu bwe baliba so tebalisigala bumu, ngʼekyuma bwe kitasobola kwetabula bulungi na bbumba. “Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda wʼeggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna. Gano ge makulu agʼokwolesebwa okukwata ku jjinja eryatemebwa mu lusozi, eritatemebwa na ngalo za muntu; eryabetentabetenta ekyuma, nʼekikomo, nʼebbumba, ne ffeeza, ne zaabu. “Katonda omukulu abikkulidde kabaka ebigenda okubaawo mu biro ebyʼomu maaso. Ekirooto kituufu nʼamakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.”
”Awo Kabaka Nebukadduneeza ne yeeyaliira ku lubuto lwe mu maaso ga Danyeri nʼamuwa ekitiibwa, nʼalagira okuwaayo obubaane nʼebiweebwayo eri Danyeri. Kabaka nʼagamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wo ye Katonda wa bakatonda era ye Mukama wa bakabaka, era omubikkuzi wʼebyama ebyakisibwa, kubanga osobozebbwa okututegeeza ekyama ekyakisibwa.” Awo kabaka nʼakuza Danyeri nʼamufuula omuntu omukulu ennyo, nʼamuwa nʼebirabo bingi. Nʼamufuula mufuzi wʼessaza lyonna erya Babulooni, nʼamuwa nʼobuvunaanyizibwa obwʼokukulira abasajja abagezigezi bonna abʼe Babulooni. Awo Danyeri nʼasaba kabaka akuze ne Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego; kabaka nʼabafuula abakulembeze nʼabawa ebifo ebyʼobuvunaanyizibwa mu ssaza eryʼe Babulooni, Danyeri ye nʼasigala awali kabaka.
”Kabaka Nebukadduneeza nʼabumbisa ekifaananyi ekya zaabu, obugulumivu mita amakumi abiri mu musanvu nʼobugazi mita bbiri ne sentimita nsanvu, nʼalagira kiteekebwe mu lusenyi lwa Dduula, mu ssaza lyʼe Babulooni. Nʼatumya abaamasaza, nʼabaamagombolola, nʼabemiruka, nʼabawi bʼamagezi, nʼabawanika, nʼabalamuzi, nʼabakungu bonna abʼomu masaza, bajje ku mukolo ogwʼokuwongera ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa. Awo abaamasaza, nʼabafuzi, nʼabamateeka, nʼabawi bʼamagezi nʼabawanika, nʼabalamuzi, nʼabakungu bonna abʼomu masaza, ne bakuŋŋaana ku mukolo ogwʼokuwonga ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa. Awo omulanzi nʼayogerera waggulu mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mulagiddwa, mmwe abantu, nʼamawanga, nʼabantu abʼennimi eza buli ngeri, bwe munaawulira eddoboozi lyʼakagombe, nʼendere, nʼennanga, nʼamadinda, nʼekidongo, nʼekkondeere, na buli ngeri yonna eyʼebivuga ebyʼamaloboozi, muteekwa okuvuunama musinze ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa. Omuntu yenna atalivuunama nʼakisinza, alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro.” Awo amawanga gonna bwe baawulira eddoboozi lyʼakagombe, nʼendere, nʼennanga, nʼamadinda, nʼekidongo, nʼekkondeere na buli ngeri yonna eyʼebivuga ebyʼamaloboozi, amawanga gonna nʼensi nʼabantu abʼennimi eza buli ngeri ne bavuunama ne basinza ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
”Awo mu biro ebyo Abakaludaaya abamu ne bawawaabira Abayudaaya. Ne bagenda eri Kabaka Nebukadduneeza ne bamugamba nti, “Wangaala, ayi kabaka! Ggwe ayi kabaka otaddewo etteeka, nti omuntu yenna anaawulira eddoboozi lyʼakagombe, nʼendere, nʼennanga, nʼamadinda, nʼekidongo, nʼekkondeere na buli ngeri yonna eyʼebivuga ebyʼamaloboozi, ateekwa okuvuunama nʼasinza ekifaananyi kya zaabu, era buli atalivuunama nʼakisinza alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro. Naye waliwo abamu ku Bayudaaya be walonda okuvunaanyizibwa ensonga ezʼessaza eryʼe Babulooni, era be ba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego abatakuwulirirako ddala ayi kabaka. Tebaweereza bakatonda bo newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.” Awo Nebukadduneeza nʼasunguwala nnyo nʼalagira baleete Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego gyʼali; ne baleetebwa mu maaso ga kabaka. Nebukadduneeza nʼababuuza nti, “Ebigambo bye mpulira bituufu nti mmwe Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego temuweereza bakatonda bange, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye nabumbisa? Kaakano, bwe munaawulira eddoboozi lyʼakagombe, nʼendere, nʼennanga, nʼamadinda, nʼekidongo, nʼekkondeere na buli ngeri yonna eyʼebivuga ebyʼamaloboozi, mwetegeke okuvuunama nʼokusinza ekifaananyi kye nabumbisa. Naye bwe mutaakisinze, ku ssaawa eyo yennyini munaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, kale tulyoke tulabe katonda oyo anaayinza okubawonya mu mukono gwange.”
”Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne baddamu kabaka nti, “Ayi Nebukadduneeza, tekitugwanira kwewolereza mu maaso go ku nsonga eyo. Bwe tunaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, Katonda gwe tuweereza anaatuwonya ekikoomi ekyaka omuliro era anaatulokola mu mukono gwo, ayi kabaka. Naye ne bwe kitaabe bwe kityo, twagala okimanye, ayi kabaka nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.” Awo Nebukadduneeza ne yeeyongera okusunguwalira Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nʼamaaso ge ne gaba masunguwavu nnyo ngʼajjudde obuswandi. Nʼalagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okusinga ne bwe kyali kyase. Nʼalagira abamu ku baserikale be abʼamaanyi okusiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nʼoluvannyuma basuulibwe mu kikoomi ekyaka omuliro. Amangwago ne basiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nga bambadde ebyambalo byabwe ebyʼekitiibwa, ne seruwale zaabwe, nʼeminagiro gyabwe nʼengoye zaabwe endala, ne basuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro. Olwʼokubanga ekiragiro kya kabaka kyali kya mbagirawo nga nʼekyoto kyaka nnyo nnyini, ennimi ezʼomuliro ne zitta abasajja abaasitula Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego. Awo abasajja abo abasatu Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka omuliro nga basibiddwa.
”Awo Kabaka Nebukadduneeza, mu kwewuunya nʼagolokoka mangu nʼabuuza abakungu be nti, “Mu muliro tetwasuddemu abasajja basatu nga basibiddwa?” Ne bamuddamu nti, “Bwe kyabadde, ayi kabaka.” Nʼayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so nʼowookuna ngʼafaanana ngʼomwana wa bakatonda.” Nebukadduneeza nʼalyoka asembera ku mulyango gwʼekikoomi ekyaka omuliro, nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego, abaddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, mufulume mujje wano.” Awo Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne bava mu muliro. Abaamasaza, nʼabemiruka, nʼabafuzi abʼebitundu, nʼabakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ngʼomuliro tegubookezza, so nʼenviiri zaabwe nga tezisiridde, so nʼengoye zaabwe nga tezookeddwa, so nʼolusu lwʼomuliro nga terubawunyako.
”Nebukadduneeza nʼayogera nti, “Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we nʼalokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo. Noolwekyo nteeka etteeka nga buli muntu owʼeggwanga lyonna, na buli muntu owʼolulimi lwonna olwa buli ngeri alyogera obubi ku Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, alitemebwatemebwa, nʼennyumba ye erimenyebwamenyebwa, kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.” Awo kabaka nʼakuza Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego mu ssaza eryʼe Babulooni.
”Kabaka Nebukadduneeza nʼalangirira eri abantu, nʼamawanga nʼabantu abʼennimi eza buli ngeri, mu nsi yonna bwʼati nti: Emirembe gibeere nammwe! Lye ssanyu lyange okubategeeza ku bigambo ebyʼamagero era ebikulu Katonda Ali Waggulu Ennyo byankoledde. Obubonero bwe nga bukulu, nʼebyʼamagero bye nga byewuunyisa! Obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe; Nʼokufuga kwe tekuliggwaawo.
”“ ‘Omusango ogwo gulangiriddwa ababaka, abatukuvu be baasanguza ekisaliddwawo, abalamu balyoke bategeere ngʼOyo Ali Waggulu Ennyo yʼafuga obwakabaka bwʼabantu, era abuwa buli gwʼasiima, era alonda abantu abasemberayo ddala okuba aba wansi okubafuga.’ ”
”Oligobebwa okuva mu bantu era olibeera nʼensolo ezʼomu nsiko; olirya omuddo ngʼente, era olibisiwala okumala emyaka musanvu okutuusa lwʼolitegeera ngʼOyo Ali Waggulu Ennyo yʼafuga obwakabaka bwʼabantu, era abugabira buli gwʼasiima.
”Noolwekyo, ayi kabaka nteesa nti; weetoowaze olekeyo ebibi byo okole ebyʼobutuukirivu, era nʼebikolwa byo ebitali bya butuukirivu obireke obeere wa kisa eri abanyigirizibwa, olyoke ofuuke mugagga okusinga nga bwʼoli kaakano.”
”Ebyo byonna byatuukirira ku Kabaka Nebukadduneeza. Bwe wayitawo emyezi kkumi nʼebiri, kabaka yali atambulira ku kasolya kʼolubiri lwe olwa Babulooni, nʼayogera nti, “Ono si ye Babulooni omukulu gwe nazimba nʼamaanyi gange amangi okuba ekibuga ekikulu ekyʼekitiibwa ekyʼobwakabaka bwange?” Awo bwe yali ngʼakyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Kuno kwe kulangirira okukukwatako Kabaka Nebukadduneeza: obwakabaka bwo bukuggyiddwako. Oligobebwa mu bantu era olibeera nʼensolo okumala emyaka musanvu okutuusa lwʼolitegeera ngʼOyo Aliwaggulu ennyo yʼafuga obwakabaka obwʼabantu era abuwa buli gwʼasiima.” Amangwago ebyayogerwa ku Nebukadduneeza ne bituukirira. Nʼagobebwa mu bantu era nʼalya omuddo ngʼente. Omubiri gwe ne gutoba omusulo ogwʼomu ggulu okutuusa enviiri ze lwe zaakula ngʼebyoya byʼempungu nʼenjala ze ngʼenjala zʼennyonyi.
”Oluvannyuma lwʼebbanga eryo, nze, Nebukadduneeza, ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne gakomawo. Ne ntendereza Oyo Ali Waggulu Ennyo, ne muwa ekitiibwa ne mugulumiza oyo abeera omulamu emirembe nʼemirembe. Okufuga kwe tekuliggwaawo, nʼobwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe. Abantu bonna abʼoku nsi abalaba nga si kintu, eggye eryʼomu ggulu nʼabantu abʼoku nsi abayisa nga bwʼasiima. Tewali ayinza okumuziyiza, newaakubadde okumubuuza nti, “Okola ki?” Mu kiseera kyekimu okutegeera kwange ne kukomawo, nʼekitiibwa nʼobuyinza obwʼobwakabaka bwange ne bunzirira. Abawi bʼamagezi bange nʼabakungu bange ne bannoonya, ne banziriza entebe yange eyʼobwakabaka ne nnyongerwako obukulu bungi okusinga ne bwe nalina. Kale nze Nebukadduneeza kyennaava mmutendereza era ne mmuwa ekitiibwa ne mmugulumiza Kabaka owʼeggulu, kubanga emirimu gye gyonna gya mazima nʼamakubo ge ga nsonga, nʼabo abʼamalala abakkakkanya.
”Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo alimu omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu mirembe gya kitaawo yasangibwa okuba nʼokutegeera, nʼamagezi, ngʼaga bakatonda, era Kabaka Nebukadduneeza kitaawo, nʼamufuula omukulu wʼabasawo, nʼabafumu, nʼAbakaludaaya, nʼabalaguzi.
”“Katonda Ali Waggulu Ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, nʼobuyinza, nʼekitiibwa nʼobukulu, ayi kabaka; era olwʼobuyinza bwe yamuwa, abantu bonna nʼamawanga gonna nʼabantu abʼennimi zonna baamutyanga era ne bakankana mu maaso ge. Abo kabaka be yayagalanga battibwe, battibwanga; nʼabo be yasonyiwanga, baasonyiyibwanga; nʼabo be yayagalanga okugulumiza bagulumizibwanga, nʼabo be yayagalanga okutoowaza, baatoowazibwanga. Naye omutima gwe bwe gwegulumiza ne gukakanyala olwʼamalala ge, yaggyibwa ku ntebe ye eyʼobwakabaka, nʼekitiibwa kye ne kimuggyibwako. Nʼagobebwa mu bantu, nʼebirowoozo bye ne biwaanyisibwa nʼaba ngʼensolo eyʼomu nsiko, nʼabeera wamu ne ndogoyi ezʼomu nsiko, nʼalya omuddo ngʼente, nʼomubiri gwe ne gutoba omusulo ogwʼeggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali Waggulu Ennyo, yʼafuga obwakabaka bwʼabantu, era yʼateekawo buli gwʼasiima.
”“Naye ggwe mutabani we, Berusazza, teweetoowazizza mu mutima newaakubadde ngʼebyo byonna wabimanya. Weegulumizizza eri Mukama wʼeggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, nʼabakungu bo, nʼabakyala bo, nʼabazaana bo mubinywereddemu omwenge, nʼoluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, nʼaba zaabu, nʼabʼebikomo, nʼabʼebyuma, nʼabʼemiti, nʼabamayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza. Kale kyeyavudde akusindikira omukono ogwawandiise ebigambo ebyo. “Era ebigambo ebyawandiikiddwa bye bino nti, MENE, MENE, TEKEL, UFARSIN. “Nʼamakulu gaabyo ge gano: MENE: Katonda akendezezza ennaku zʼobwakabaka bwo era abukomezza. TEKEL: Opimiddwa ku minzaani, era osangiddwa ngʼobulako; PERES: Obwakabaka bwo bugabanyiziddwamu, era buweereddwa Abameedi nʼAbaperusi.” Awo amangwago Berusazza nʼalagira Danyeri ayambazibwe engoye ezʼeffulungu, era bamwambaze omukuufu ogwa zaabu, era nʼekiragiro ne kiyita nga bwʼali omukulembeze owookusatu mu bwakabaka. Ekiro ekyo Berusazza kabaka wʼAbakaludaaya nʼattibwa. Daliyo Omumeedi nʼalya obwakabaka nga wa myaka nkaaga mu ebiri.
”Daliyo yalonda abaamasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwonna, era mu abo nʼalonda abaabakuliranga basatu, Danyeri nga yʼomu ku bo. Abaamasaza baateekebwawo okutegeezanga ngʼobwakabaka bwe, bwe bwaddukanyizibwanga, kabaka aleme kufiirizibwa. Era ekyo ne kisanyusa Daliyo. Mu biro ebyo Danyeri nʼayatiikirira nnyo okusinga abakulu abalala bonna nʼabaamasaza bonna kubanga yalimu omwoyo omulungi, era kabaka nʼateekateeka okumukuza okuvunaanyizibwanga ensonga zonna zʼobwakabaka bwonna. Olwawulira ebyo, abakungu abalala ababiri nʼabaamasaza ne basala amagezi okunoonya ensonga ku Danyeri ku nzirukanya ye eyʼebyemirimu egyʼobwakabaka, naye ne batayinza kulaba nsonga nkyamu newaakubadde akabi konna, kubanga yali musajja mwesigwa ataalina kwonoona okwʼengeri yonna newaakubadde obulagajjavu. Awo abasajja abo ne bayiiya ensonga endala, ne boogera nti, “Tetugenda kulaba nsonga evunaanyisa Danyeri wabula ngʼekwata ku tteeka lya Katonda we.” Abakungu abo nʼabaamasaza kyebaava bagenda bonna eri kabaka mu kibiina ne boogera nti, “Ayi kabaka Daliyo, owangaale! Abakungu bonna, nʼabamyuka baabwe, nʼabaamasaza, nʼabawi bʼamagezi abʼoku ntikko, nʼabakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, nʼokuwa ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga eri katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu ezinaddirira, okuggyako ngʼasinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku yʼempologoma. Kaakano ayi kabaka teeka etteeka era liwandiikibwe, ngʼamateeka gʼAbameedi nʼAbaperusi agatajjulukuka bwe gali, kireme okukyusibwa.” Awo kabaka Daliyo nʼakola etteeka nʼalissaako nʼomukono gwe.
”Awo Danyeri bwe yamanya ngʼetteeka liwandiikiddwa, nʼagenda ewuwe mu nnyumba ye, nʼayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, nʼafukamiranga emirundi esatu olunaku, nʼasabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo. Awo abasajja bali ne bateekateeka okugenda ngʼekibiina ne basanga Danyeri ngʼasaba era nga yeegayirira Katonda we. Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ngʼasinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku yʼempologoma?” Kabaka nʼaddamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ngʼamateeka gʼAbameedi nʼAbaperusi bwe gali agatajjulukuka.” Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka lyʼowandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.” Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo nʼanakuwala nnyo, nʼagezaako okuwonya Danyeri, era nʼamala olunaku lwonna ngʼafuba nnyo okumuwonya. Naye abasajja ne bagenda bonna ngʼekibiina eri kabaka ne bamugamba nti, “Jjukira, ayi kabaka, ngʼetteeka eryʼAbameedi nʼAbaperusi kabaka lyʼataddeko omukono, terikyusibwa.”
”Awo kabaka nʼalagira, Danyeri nʼaleetebwa, nʼasuulibwa mu mpuku yʼempologoma. Kabaka nʼagamba Danyeri nti, “Nkusabira eri Katonda wo, gwʼoweereza bulijjo akulokole!” Ne baleeta ejjinja ne baliteeka ku mulyango gwʼempuku, kabaka nʼalissaako akabonero ke ye, nʼabakungu be ne balissaako obubonero bwabwe, ekigambo kyonna kireme okukyusibwa ku nsonga ya Danyeri. Awo kabaka nʼaddayo mu lubiri lwe, naye nʼatalya kintu na kimu ekiro ekyo, era nʼatakkiriza kusanyusibwa, nʼotulo ne tumubula.
”Ku makya ennyo emambya ngʼesaze, kabaka nʼagolokoka nʼayanguwa okugenda ku mpuku eyʼempologoma. Bwe yasembera okumpi ne Danyeri we yali, nʼamukoowoola mu ddoboozi eryʼennaku ngʼagamba nti, “Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gwʼoweereza bulijjo akuwonyezza empologoma?” Danyeri nʼaddamu nti, “Wangaala, ayi kabaka. Katonda wange yatumye malayika we, nʼaziba emimwa gyʼempologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.” Kabaka nʼasanyuka nnyo nʼalagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri nʼaggyibwa mu mpuku, nʼatasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we.
”Awo amangwago kabaka nʼalagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku yʼempologoma, wamu ne bakyala baabwe nʼabaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo yʼempuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna. Awo kabaka Daliyo nʼawandiikira abantu bonna, nʼamawanga gonna nʼabantu abʼennimi zonna mu nsi yonna nti, “Emirembe gibeere gye muli!” “Nteeka etteeka mu buli kitundu kyʼobwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya nʼokussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa.” “Kubanga ye Katonda omulamu, abeerera emirembe gyonna; nʼobwakabaka bwe tebuliggwaawo, nʼokufuga kwe tekulikoma. Alokola era awonya: akola obubonero nʼebyamagero mu ggulu ne ku nsi. Yalokodde Danyeri mu mannyo gʼempologoma.” Awo Danyeri nʼaba nʼomukisa mu mirembe gya Daliyo era nʼawangaala okutuusa ne mu mirembe gya Kuulo Omuperuzi.
”Nʼaweebwa obuyinza, nʼekitiibwa, nʼobwakabaka nʼamaanyi agava waggulu; abantu bonna, nʼamawanga gonna, nʼabantu abʼennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, nʼobwakabaka bwe tebulizikirizibwa.
”‘Ensolo enkambwe ezo ennya, be bakabaka abana abalisibuka mu nsi. Naye abatukuvu abʼOyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe nʼemirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’
”“Awo ne njagala okumanya ensolo enkambwe eyokuna kyʼetegeeza, etaafaanana ngʼendala zonna, eyali eyʼentiisa ennyo, amannyo gaayo nga ga kyuma, nʼenjala zaayo nga za kikomo, eyabetenta, nʼemenyaamenya era nʼerinnyirira ezaasigalawo. Ate ne njagala nʼokumanya ku byʼamayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, ne ku byʼejjembe liri eddala eryasibuka wakati mu go, asatu ne galivuunamira, ejjembe eryo lye lyalina amaaso nʼakamwa akayogeranga ebyʼokwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga ganne gaalyo.
”“Nʼannyinnyonnyola nti, ‘Ensolo enkambwe eyokuna bwe bwakabaka obwokuna obulirabika ku nsi, era tebulifaanana ngʼobwakabaka obulala; era bulirya ensi yonna, ne bugirinnyirira ne bugibetentabetenta. Amayembe ekkumi, be bakabaka ekkumi abaliva mu bwakabaka obwo, era walirabikawo nʼomulala oluvannyuma lwʼabo, atalifaanana ngʼaboolubereberye. Aliwangula bakabaka basatu.
”Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo nʼamateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu nʼekitundu. “ ‘Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, nʼobuyinza bwe ne bumuggyibwako, ne buzikiririzibwa ddala.
”Nʼoluvannyuma ekitiibwa, nʼobuyinza nʼobukulu obwʼobwakabaka obuli wansi wʼeggulu, buliweebwa abatukuvu bʼOyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, nʼamatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’
”Bakabaka bombi abaamalirira okukola ebyʼekyejo mu mitima gyabwe, balituula ku mmeeza emu, ne bakuusagana naye tewalibaawo kyamazima kiteesebwa kubanga enkomerero erituuka mu biro ebyalagirwa.
”“Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera ekyʼokubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kwʼamawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa.
”Balonda bakabaka nga sikkirizza, balonda abakulembeze be sikakasizza. Beekolera ebifaananyi ebyole mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.
”Ndibazikiriza mmwe Isirayiri, kubanga munnwanyisa. Kabaka wammwe ali wa, abalokole? Abafuzi abʼomu bibuga byo byonna bali ludda wa, be wayogerako nti, ‘Tuwe kabaka nʼabafuzi?’ Nabawa kabaka nga nsunguwadde, ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
”Abantu bʼomu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi. Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka wʼe Nineeve, nʼayimuka ku ntebe ye eyʼobwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, nʼatuula mu nfuufu. Kabaka teyakoma awo, wabula nʼayisa nʼetteeka nʼalibunya Nineeve yonna nga ligamba nti, Olwʼekiragiro kya kabaka nʼabakungu be: “Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana nʼekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi; naye buli muntu nʼekisibo bibikkibwe nʼebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona nʼokukola ebyʼobukambwe.
”Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo, mmwe abafuzi bʼennyumba ya Isirayiri. Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya, mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi; mmwe ababaagako abantu bange eddiba ne mubaggyako ennyama ku magumba? Mulya ennyama yaabwe, ne mubabaagako eddiba, amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya, era ne mubasalaasala ngʼennyama eneefumbibwa mu nsaka.”
”Mumpulirize mmwe abakulembeze bʼennyumba ya Yakobo, Mmwe abafuzi bʼennyumba ya Isirayiri, Mmwe abanyooma obwenkanya Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu; mmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi, Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu.
”Aliramula amawanga atereeze ensonga wakati wʼamawanga gakirimaanyi agʼewala. Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi, nʼamafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
”“Naye ggwe Besirekemu Efulasa, newaakubadde ngʼoli mutono mu bika bya Yuda, mu ggwe mwe muliva alibeera omufuzi wange mu Isirayiri. Oyo yaliwo okuva edda nʼedda, ngʼensi tennabaawo.”
”Mukama alibeera kabaka owʼensi zonna: ku lunaku olwo Mukama alibeera omu yekka nʼerinnya lye liribeera erinnya lyokka.
”Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama kabaka owʼEggye era nʼokukwatanga embaga eyʼensiisira. Omuntu yenna mu nsi bwʼataagendenga Yerusaalemi kusinza Mukama Kabaka owʼEggye, taafunenga nkuba. Abamisiri bwe bataagendenga kwetabamu, tebaafunenga nkuba. Mukama anaabareeteranga kawumpuli, gwakubisa amawanga agatagenda kukwata mbaga eyʼensiisira. Ekyo kye kinaabanga ekibonerezo kya Misiri nʼamawanga gonna agataayambukenga kukwata mbaga ya nsiisira.
”Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu ekyʼomu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti, “Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka wʼAbayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.” Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi. Nʼayita bakabona abakulu bonna nʼabawandiisi bʼamateeka nʼabeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. Ne bamuddamu nti, “Mu Besirekemu ekyʼomu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti, ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda, toli mutono mu balangira ba Yuda, kubanga omufuzi aliva mu ggwe, alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”
”Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama nʼalabikira Yusufu mu kirooto nʼamugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ngʼayagala okumutta.” Ekiro ekyo nʼasituka nʼatwala Omwana ne nnyina e Misiri. Ne babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti: “Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.”
”Kerode bwe yalaba ngʼAbagezigezi banyoomye ekiragiro kye, nʼasunguwala nnyo, nʼatuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi abʼemyaka ebiri nʼabatannagiweza, ngʼasinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye.
”Ate Setaani nʼamutwala ku lusozi oluwanvu nʼamulengeza ensi zonna nʼobwakabaka bwamu nʼekitiibwa kyabwo kyonna, nʼamugamba nti, “Bino byonna nnaabikuwa bwʼonoovuunama nʼonsinza.” Yesu nʼaddamu nti, “Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gwʼoweerezanga.’ ”
”“Tewali nʼomu ayinza kuweereza baami babiri, kubanga alikyawako omu nʼayagala omulala oba aliwulirako omu nʼanyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona. ”
”Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu babakolerenga nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”
”“Mwekuume abantu! Kubanga balibawaayo eri enkiiko zʼAbakadde, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe, ne babakuba emigo. Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, okuba abajulirwa eri bo nʼabannaggwanga. Bwe muweebwangayo, temweraliikiriranga kye munaawoza, kubanga kinaabaweebwanga mu kiseera ekyo. Kubanga si mmwe mugenda okwogera wabula Omwoyo wa Kitammwe yʼalyogerera mu mmwe!
”Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu muddukirenga mu kirala! Ddala ddala mbagamba nti muliba temunnabuna bibuga bya Isirayiri, Omwana wʼOmuntu nʼajja.
”Mu kiseera ekyo Kabaka Kerode bwe yawulira ettutumu lya Yesu nʼagamba abaweereza be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, era yʼakola ebyʼamagero.”
”Kuba Kerode yali amaze okukwata Yokaana nʼamussa mu kkomera, kubanga Yokaana yamunenya olwa Kerodiya muka Firipo muganda we, kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okusigula muka muganda wo nʼomufuula owuwo.” Kerode yali ayagala kumutta naye nʼatya abantu kubanga baalowooza Yokaana okuba nnabbi. Olunaku lwʼamazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya nʼazina nnyo ku mbaga nʼasanyusa nnyo Kerode. Awo Kerode nʼasuubiza omuwala ngʼalayira okumuwa kyonna kyʼanaamusaba. Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, nʼagamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.” Kabaka ekintu ekyo ne kimunakuwaza nnyo. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso gʼabagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere. Ne bagenda mu kkomera ne batemako Yokaana omutwe ne baguleetera ku lusaniya ne baguwa omuwala, naye nʼagutwalira nnyina.
”Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza bʼomusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa musolo?” Peetero nʼabaddamu nti, “Awa!” Peetero nʼayingira mu nnyumba. Naye Yesu nʼamwesooka nʼamubuuza nti, “Olowooza otya Simooni, bakabaka bʼensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?” Peetero nʼaddamu nti, “Basolooza ku bannamawanga.” Yesu nʼamugamba nti, “Kale bannansi bo ba ddembe.” “Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja kyʼonoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri, ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange nʼogugwo.”
”Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiriwa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba nedda?” Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, nʼabagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali. Nʼababuuza nti, “Kino ekifaananyi nʼobuwandiike ebiriko byʼani?” Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” Nʼabagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, nʼebya Katonda mubiwenga Katonda.”
”Kyenva mbaweereza bannabbi, nʼabasajja abʼamagezi, nʼabawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, nʼabalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe.
”Munaatera okuwulira entalo nʼeŋŋambo zʼentalo. Temwekanganga, kubanga ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka. Amawanga galirwana ne gannaago, nʼobwakabaka bulirwana nʼobwakabaka, era walibaawo enjala mu bifo bingi ne musisi aliyuuguumya ebifo bingi. Naye bino byonna biriba ntandikwa butandikwa ngʼeyʼokulumwa okuzaala.” “Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olwʼerinnya lyange.
”Bakabona abakulu nʼAbasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obwʼobulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo ekyʼokufa. Kyokka ne bafunayo batono abʼobujulirwa obwʼobulimba. Nʼevumbukayo babiri
”Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi, nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye yʼaluwa?”
”Awo Yesu bwe yayimirira mu maaso ga gavana, Omuruumi, gavana nʼamubuuza nti, “Ggwe Kabaka wʼAbayudaaya?” Yesu nʼamuddamu nti, “Okyogedde.” Naye bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya bwe baaleeta ensonga zaabwe ze baasinziirako okumuwawaabira, Yesu teyabaanukula. Piraato kwe kumubuuza nti, “Ebyo byonna bye bakwogerako tobiwulira?” Naye Yesu nʼataddamu kigambo na kimu, era gavana ne kimwewuunyisa nnyo.
”Naye abaserikale baasooka kumutwala mu luggya lwʼolubiri lwa Piraato ne bakuŋŋaanira eyo, ne bayita bannaabwe bonna. Awo ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza ekyambalo ekimyufu, ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, “Mirembe, Kabaka wʼAbayudaaya!” Ne bamuwandira amalusu, ne bamusikako olumuli ne balumukubya ku mutwe. Ebyʼokumuduulira bwe byaggwa, ne bamwambulamu ekyambalo ekimyufu, ne bamwambaza ekyambalo kye ekya bulijjo, ne balyoka bamufulumya okumutwala okumukomerera.
”Ne bawanika ekipande waggulu wʼomutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti, “ONO YE YESU, KABAKA WʼABAYUDAAYA.”
”“Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bwʼali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza!
”Awo Yesu nʼasemberera abayigirizwa be nʼabategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.
”Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu nʼajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda, ngʼagamba nti, “Ekiseera kituukiridde, nʼobwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.”
”Awo Kabaka Kerode nʼawulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna olwʼebyamagero bye yakolanga. Naye Kerode nʼalowooza nti Yokaana Omubatiza yʼazuukidde, kubanga abantu baayogeranga nti, “Tewali muntu mulala ayinza kukola byamagero nga bino.” Naye abalala ne balowooza nti Eriya. Nʼabalala ne bagamba nti Nnabbi ngʼomu ku bannabbi abʼedda. Kerode bwe yabiwulira ye nʼagamba nti, “Oyo Yokaana, omusajja gwe natemako omutwe, yʼazuukide mu bafu.”
”Kubanga Kerode yennyini ye yatuma abaserikale be ne bakwata Yokaana Omubatiza ne bamuggalira mu kkomera, olwa Kerudiya muka muganda we Firipo, Kerode gwe yali awasizza. Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okutwala Kerudiya muka muganda wo Firipo.” Kerudiya nʼayagala okutta Yokaana yeesasuze, naye nga tayinza. Kubanga Kerode yatyanga Yokaana Omubatiza, ngʼamuwa ekitiibwa ngʼomuntu wa Katonda owʼamazima era omutukuvu, era ngʼamukuuma. Era Kerode bwe yayogeranga ne Yokaana ngʼemmeeme ye tetereera, so nga yali ayagala nnyo okuwuliriza byʼamugamba. Naye olwali olwo, Kabaka Kerode nʼafumba embaga ku lunaku lwʼamazaalibwa ge, nʼayita abakungu be nʼabakulu bʼabaserikale nʼabaami bonna abatutumufu mu Ggaliraaya. Awo muwala wa Kerudiya yennyini nʼajja nʼazina nnyo, nʼasanyusa Kerode nʼabagenyi be yali atudde nabo ku mbaga. Awo Kabaka Kerode nʼagamba omuwala nti, “Nsaba kyonna kyʼoyagala nange nnaakikuwa.” Era nʼayongera okumulayirira nti, “Kyonna kyonna kyʼononsaba yadde ekitundu kyʼobwakabaka bwange nnaakikuwa!” Awo omuwala nʼafuluma ne yeebuuza ku nnyina. Nnyina nʼamugamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza!” Omuwala nʼaddayo mangu eri kabaka nʼamusaba nti, “Njagala ompe kaakano, ku ssowaani, omutwe gwa Yokaana Omubatiza!” Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, nʼanyiikaala nnyo, kyokka olwokubanga yali amaze okulayira nʼokweyama ngʼabagenyi be bawulira, nʼatya okumenya obweyamo bwe. Bwʼatyo nʼayita omuserikale we, nʼamulagira agende aleete omutwe gwa Yokaana. Omuserikale nʼagenda nʼatemako Yokaana omutwe, nʼaguleeteera ku lutiba, nʼaguwa omuwala nʼomuwala nʼagutwalira nnyina.
”Awo ne bajja gyʼali ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ngʼoyogera mazima era tolina gwʼotya. Toffaayo ku nfaanana yʼabantu, wabula amazima ameereere, era oyigiriza ekkubo lya Katonda. Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tetugumuwa?” Naye Yesu nʼategeera obunnanfuusi bwabwe nʼabagamba nti, “Lwaki munkema. Mundeetere ensimbi ngirabe.” Ne bagimuleetera, nʼababuuza nti, “Ekifaananyi kino nʼebiwandiiko ebiri ku nsimbi kuno byʼani?” Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” Nʼabagamba nti “Kale ebintu bya Kayisaali mubiwenga Kayisaali nʼebya Katonda, mubiwenga Katonda!” Ne bamwewuunya nnyo.
”Naye bwe muliwulira entalo, nʼeŋŋambo ezʼentalo, temutyanga. Kyetaaga ebyo byonna okubaawo naye enkomerero eriba tennatuuka. Kubanga amawanga galirwanagana, nʼobwakabaka bulirwana nʼobwakabaka, era musisi aliyita mu bifo bingi, nʼenjala nnyingi erigwa. Okulumwa ngʼokwʼokuzaala kuliba kutandika butandisi.”
”“Mwekuume mmwe. Balibaawo mu mbuga zʼamateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali. Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna. Bwe bali bakwata ne babawaayo, temweraliikiriranga kya kuwoza. Kye munaaweebwanga okwogera mu kiseera ekyo kye munaayogeranga kubanga si mmwe muliba mwogera wabula Mwoyo Mutukuvu yʼaliba ayogerera mu mmwe.”
”Awo Yesu nʼatwalibwa eri Kabona Asinga Obukulu, bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya nʼabannyonnyozi bʼamateeka. Peetero nʼavaako walako ennyuma ngʼajja agoberera, nʼayita mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, nʼatuula ku kyoto nʼabaweereza we baali bootera omuliro. Bakabona abakulu, nʼOlukiiko Olukulu olwʼAbayudaaya, baali banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubabula. Bangi baayogera ebyʼobulimba ku ye, naye obujulizi bwabwe nga bukoonagana bukoonaganyi.
”Awo Kabona Asinga Obukulu nʼayuza ebyambalo bye, nʼagamba nti, “Ate twetaagira ki abajulizi? Muwulidde obuvvoozi. Musala mutya omusango guno?” Bonna ne bamusalira gwa kufa. Abamu ne batandika okumuwandulira amalusu, ne bamusiba kantuntunu ku maaso, ne bamukuba empi mu maaso, nga bwe bamuduulira nga bagamba nti, “Lagula.” Nʼabaserikale nabo ne bamukuba ebikonde nga bamufulumya.
”Amangwago mu makya olukiiko lwa bakabona abakulu, nʼabakulembeze bʼAbayudaaya, nʼabannyonnyozi bʼamateeka lwe Lukiiko Olukulu lwonna, ne bakuŋŋaana ne basiba Yesu, ne bamuweereza ewa Piraato. Piraato nʼabuuza Yesu nti, “Ggwe Kabaka wʼAbayudaaya?” Yesu nʼamuddamu nti, “Oyogedde.” Awo bakabona abakulu ne bamulumiriza ebintu bingi. Naye Piraato nʼaddamu nʼamubuuza nti, “Lwaki toliiko kyʼoddamu? Laba bakulumiriza ebintu bingi.” Naye Yesu nʼasirika busirisi, era Piraato nʼamwewuunya nnyo.
”Nʼababuuza nti, “Mwandyagadde mbasumululire kabaka wʼAbayudaaya?”
”Naye Piraato nʼaddamu nʼababuuza nti, “Omuntu ono gwe muyita kabaka wʼAbayudaaya mwandyagadde mmukole ntya?” Ne bawowoggana nti, “Mukomerere!”
”Awo Piraato okusanyusa ekibiina, nʼabasumululira Balaba. Nʼawaayo Yesu akomererwe ngʼamaze okumukuba. Awo Abaserikale ne batwala Yesu mu luggya oluyitibwa Pulayitoliyo, ne bayita bannaabwe bonna abakuuma olubiri, ne bakuŋŋaana. Ne bamwambaza ekyambalo ekya ffulungu, ne bakola engule mu maggwa ne bagissa ku mutwe gwe. Ne balyoka bamulamusa nga bwe bagamba nti, “Mirembe! Kabaka wʼAbayudaaya!” Ne bamukuba omuggo ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, ne bamufukaamirira nga bwe bamuvuunamira. Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu ekyambalo ekya ffulungu ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera.
”Ne batimba ekipande waggulu wʼomutwe gwa Yesu, okwawandiikibwa nti, “KABAKA WʼABAYUDAAYA.”
”“Ggwe! Kristo, Kabaka wa Isirayiri! Kale kka ove ku musaalaba naffe tunaakukkiriza!” Nʼabanyazi ababiri abaakomererwa naye, nabo ne bamuvuma.
”Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana wʼOyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe eyʼobwakabaka eya jjajjaawe Dawudi. Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era nʼobwakabaka bwe tebulikoma.”
”Awo olwatuuka mu biseera ebyo, Kayisaali Agusito nʼayisa etteeka abantu bonna beewandiisa. Okubala kuno kwe kwasooka okubaawo ku mulembe gwa Kuleniyo nga ye gavana wʼObusuuli. Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga kyʼewaabwe.
”Awo mu mwaka ogwʼekkumi nʼettaano ogwʼokufuga kwa Kayisaali Tiberiyo, Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, Kerode nga yʼafuga Ggaliraaya, muganda we Firipo nga yʼafuga Italiya ne Tirakoniti, ne Lusaniya nga yʼafuga Abireene, Ana ne Kayaafa nga be Bakabona Abasinga Obukulu, Yokaana, mutabani wa Zaakaliya ngʼali mu ddungu, nʼafuna obubaka obuva eri Katonda.
”Naye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olwʼokutwala Kerodiya eyali muka muganda we, nʼolwʼebibi ebirala Kerode bye yali akoze, ate ku ebyo byonna Kerode nʼayongerako na kino: nʼakwata Yokaana nʼamuggalira mu kkomera.
”Awo Kerode eyali afuga Ggaliraaya bwe yawulira ebintu ebyo byonna, nʼasoberwa, kubanga abantu abamu baali bagamba nti, “Yokaana azuukidde mu bafu,” nʼabalala nti, “Eriya yali alabise,” nʼabalala nti, “Omu ku bannabbi abʼedda azuukidde mu bafu.” Naye Kerode ne yeebuuza nti, “Yokaana namutemako omutwe; naye ate kale ono ye ani gwe mpulirako ebigambo bino byonna?” Nʼayagala okulaba Yesu.
”Noolwekyo Katonda mu magezi ge, kyeyava agamba nti, ‘Ndibaweereza bannabbi nʼabatume, abamu balibatta nʼabalala balibayigganya.’ Era abʼomulembe guno kyemuliva muvunaanibwa olwʼomusaayi gwa bannabbi bonna okuviira ddala ku kutondebwa kwʼensi,
”Bwʼobanga ogenda nʼakuwawaabira mu mbuga zʼamateeka, gezaako okumusaba ensonga zammwe muzimalire mu kkubo nga tezinnatuuka wa mulamuzi, talwa kukutwala wa mulamuzi, nʼomulamuzi nʼakuwaayo eri omuserikale, nʼomuserikale nʼakusibira mu kkomera.
”“Tewali muddu ayinza kuweereza bakulu babiri. Kubanga alikyawako omu nʼayagala omulala, oba aliwulirako omu nʼanyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”
”“Nʼabaddamu nti, ‘Mbagamba nti Abo abalina, be balyeyongera okuweebwa; ate abo abatalina, nʼakatono ke balina kalibaggibwako. Kaakano njagala abo bonna abalabe bange, abaajeema nga tebaagala mbeere kabaka waabwe, mubandeetere wano, mubattire mu maaso gange.’ ”
”Kyetuva tukubuuza nti Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?” Yesu nʼategeera mangu obukuusa bwabwe, nʼabagamba nti, “Mundage ensimbi eya ffeeza. Ekifaananyi kino ekiriko kyʼani? Nʼerinnya lino lyʼani?” Ne baddamu nti, “Bya Kayisaali.” Nʼabagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, nʼebya Katonda mubiwe Katonda.”
”“Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lwʼerinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera.
”okutuula nʼokulya era nʼokunywera ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange obwo, era mulituula ku ntebe ne mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi nʼebibiri.
”Awo abasajja abaali bakuuma Yesu ne batandika okumuduulira nʼokumukuba. Ne bamusiba ekitambaala ku maaso ne bamukuba ebikonde, oluvannyuma ne bamubuuza nti, “Nnabbi! yogera ani akukubye?” Ne bamuvuma nʼebigambo ebirala bingi. Enkeera mu makya Olukiiko Olukulu olwʼAbayudaaya, nga lulimu bakabona abakulu, nʼabannyonnyozi bʼamateeka, nʼabakulembeze bʼAbayudaaya, ne lutuula. Yesu nʼaleetebwa mu maaso gʼOlukiiko olwo. Ne bamubuuza nti, “Obanga ggwe Kristo, tubuulire.” Yesu nʼabaddamu nti, “Bwe nnaababuulira temujja kunzikiriza,
”Ne batandika okumuwawaabira nti, “Omuntu ono ajagalaza eggwanga lyaffe, ngʼatuziyiza okuwa Kayisaali omusolo, nga yeeyita Kristo, kabaka.” Piraato kwe kubuuza Yesu nti, “Ggwe kabaka wʼAbayudaaya?” Yesu nʼamuddamu nti, “Ggwe okyogedde.” Awo Piraato nʼakyukira bakabona abakulu nʼekibiina kyʼabantu nʼabagamba nti, “Siraba musango muntu ono gwʼazizza.”
”Nʼabaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu, nga bagamba nti, “Obanga ggwe Kabaka wʼAbayudaaya, weerokole!” Waggulu wʼomutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti, “ONO YE KABAKA WʼABAYUDAAYA.”
”Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa nʼamazima.
”Nassanayiri nʼamuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”
”Awo waaliwo omukulembeze wʼAbayudaaya erinnya lye Nikodemo, Omufalisaayo, nʼajja eri Yesu ekiro okwogera naye. Nʼamugamba nti, “Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda kubanga ebyʼamagero byʼokola tewali ayinza kubikola okuggyako nga Katonda ali wamu naye.” Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bwʼatazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”
”Okuva olwo Abayudaaya ne batandika okuyigganya Yesu, kubanga yakolanga ebintu ebifaanana ngʼekyo ku Ssabbiiti.
”Yesu bwe yategeera nti Bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe nʼaddayo yekka ku lusozi.
”Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali bazze ku mbaga eyʼOkuyitako bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemi, ne bakwata amatabi gʼenkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti, “Ozaana.” “Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.” “Ye Kabaka wa Isirayiri.”
”Awo Piraato nʼaddayo mu lubiri nʼayita Yesu. Nʼamubuuza nti, “Ggwe Kabaka wʼAbayudaaya?” Yesu nʼaddamu nti, “Ekyo okyogedde ku bubwo oba balala be bakubuulidde ebinfaako?” Piraato nʼamubuuza nti, “Nze ndi Muyudaaya? Abantu bo ne Kabona Asinga Obukulu be bakundeetedde. Okoze ki?” Yesu nʼaddamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa bubadde bwa mu nsi eno abaweereza bange bandirwanye ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” Piraato nʼamubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?” Yesu nʼamuddamu nti, “Okyogedde nti ndi kabaka. Ekyo kye nnazaalirwa era kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Era abo bonna abaagala amazima bawulira eddoboozi lyange.” Piraato nʼamubuuza nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera bwʼatyo nʼafuluma ebweru eri Abayudaaya nʼabagamba nti, “Omuntu ono talina musango. Naye ku buli mbaga ejjuukirirwako Okuyitako mulina empisa, onkusaba mbateere omusibe omu. Kale mwagala mbateere Kabaka wʼAbayudaaya?”
”ne bajja wʼali ne bamugamba nti, “Mirembe, Kabaka wʼAbayudaaya!” Ne bamukuba empi.
”Piraato bwe yawulira ekyo ne yeeyongera okutya. Nʼazzaayo Yesu mu lubiri, nʼamubuuza nti, “Oli wa wa?” Yesu nʼatamuddamu kigambo. Piraato nʼamugamba nti, “Tonziramu? Tomanyi nga nnina obuyinza okukuta oba okukukomerera?” Yesu nʼamuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza ku Nze nʼakatono, singa tebukuweebwa kuva waggulu. Noolwekyo abo abampaddeyo gyʼoli be balina ekibi ekisinga.” Okuva mu kiseera ekyo Piraato nʼasala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Bwʼota omuntu oyo nga tokyali mukwano gwa Kayisaali. Buli eyeefuula kabaka aba awakanya Kayisaali.”
”Lwali lunaku lwa kutegeka Mbaga ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ezʼomu ttuntu. Piraato nʼagamba Abayudaaya nti, “Kabaka wammwe wuuno!” Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Muggyeewo, muggyeewo, mukomerere!” Piraato nʼababuuza nti, “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera?” Bakabona ne baddamu nti, “Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaali.”
”Piraato nʼakola ekiwandiiko nʼakiteeka ku musaalaba, nga kisoma nti: “YESU Omunnazaaleesi, KABAKA WʼABAYUDAAYA.” Ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi nʼekibuga, era Abayudaaya bangi abaasoma ekiwandiiko ekyo kubanga kyali mu Lwebbulaniya, ne mu Lulatini ne Luyonaani. Awo bakabona abakulu abʼAbayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti, ‘Kabaka wʼAbayudaaya,’ naye nti, ‘Oyo eyeeyita Kabaka wʼAbayudaaya.’ ” Piraato nʼaddamu nti, “Ekyo kye mpandiise kye mpandiise.”
”Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu. Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda. Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, nʼebigambo bye twawulira.” Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olwʼekyo ekyabaawo.
”Awo Peetero ne Yokaana bwe baateebwa ne baddayo eri bannaabwe ne bababuulira byonna bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya bye baabagamba. Bonna bwe baabiwulira ne bayimusiza wamu amaloboozi gaabwe nʼomwoyo gumu eri Katonda ne basaba nti, “Ayi Mukama, Omutonzi wʼeggulu nʼensi nʼennyanja ne byonna ebibirimu, ggwe Kitaffe wayogerera ku bwa Mwoyo Mutukuvu mu kamwa kʼomuweereza wo, Dawudi bwe yagamba nti: ‘Lwaki Abaamawanga banyiigidde, nʼabantu ne balowooza ebitaliimu? Bakabaka bʼensi nʼabakulembeze, beegatta okulwanyisa Mukama nʼokulwanyisa Kristo we.’ Kubanga baakuŋŋaanira mu kibuga. Kerode ne Pontiyo Piraato, awamu nʼAbamawanga, nʼAbayisirayiri, beegatta okulwanyisa Omuweereza wo Omutukuvu Yesu gwe wafukako amafuta, ne bakola ebyo omukono gwo nʼokuteesa kwo bye kwateekateeka edda okubaawo. Ne kaakano, Ayi Mukama, wulira okutiisatiisa kwabwe; owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo,
”Awo Kabona Asinga Obukulu, nʼabo abaali naye abʼomu kibiina kyʼAbasaddukaayo ne bajjula obuggya. Ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera lyʼabantu bonna.
”Naye mu kiro, malayika wa Mukama nʼajja nʼaggulawo enzigi zʼekkomera nʼabafulumya, nʼabagamba nti, “Mugende muyimirire mu Yeekaalu mutegeeze abantu bonna ebigambo ebyʼobulamu buno.” Bwe baawulira ebyo ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Kabona Asinga Obukulu ne be yali nabo ne bajja ne batuuza Olukiiko Olukulu olwʼabakulu bʼabaana ba Isirayiri, ne balyoka batuma mu kkomera okuleeta abasibe babawozese. Naye abaweereza bwe baatuuka mu kkomera tebaabasangamu. Ne bakomawo ne bategeeza Olukiiko Olukulu nga bagamba nti, “Tusanze enzigi zʼekkomera nga nsibe nʼabakuumi bonna nʼabaserikale nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tuziggudde, tetusanzeemu muntu nʼomu.” Awo omukulu wʼabaserikale ba Yeekaalu awamu ne bakabona abakulu bwe baawulira ebyo ne basamaalirira nga beewuunya ebintu ebyo gye binaakoma. Omuntu omu nʼajja nʼabategeeza nti, “Abasajja be mwasibye mu kkomera bali eri mu Yeekaalu bayigiriza bantu.” Awo omukulu wʼabaserikale ba Yeekaalu, nʼagenda nʼabaserikale ne babaleeta, si lwa maanyi, nga batya abantu okwegugunga nʼokukuba abaserikale amayinja. Awo abatume bwe baaleetebwa, ne bayimirira mu maaso gʼOlukiiko Olukulu, Kabona Asinga Obukulu nʼababuuza ngʼagamba nti, “Tetwabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo; naye laba mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, era mumaliridde okutuleetako omusaayi gwʼomuntu oyo.” Naye Peetero nʼabatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu.
”Abatume ne bava mu Lukiiko nga basanyuka kubanga baasaanyizibwa okukwatibwa ensonyi nʼokubonaabona olwʼErinnya.
”Awo mu biro ebyo Kabaka Kerode nʼatandika okuyigganya abamu ku bakkiriza abʼomu Kkanisa. Nʼatta Yakobo muganda wa Yokaana nʼekitala. Bwe yalaba nga kyʼakoze kisanyusizza Abayudaaya, nʼakwata Peetero mu kiseera ekyʼEmbaga eyʼEmigaati Egitazimbulukuswa nʼamusiba mu kkomera, ngʼamutaddeko abaserikale abamukuuma kkumi na mukaaga mu bibinja bina ebyʼabaserikale banabana. Kerode yali ategese amuleete mu bantu, ngʼEmbaga yʼOkuyitako ewedde. Peetero nʼakuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa nʼenyiikira nnyo okumusabira eri Katonda.
”Ekiro ekyo, ngʼenkeera Kerode ategese okuwaayo Peetero, Peetero yali yeebase wakati wʼabaserikale babiri, ngʼasibiddwa nʼenjegere bbiri, nga ne ku mulyango gwʼekkomera kuliko abakuumi. Laba malayika wa Mukama nʼayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika nʼakuba ku Peetero mu mbiriizi nʼamuzuukusa ngʼamugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi. Malayika nʼamugamba nti, “Weesibe olukoba lwo, oyambale nʼengatto zo.” Peetero nʼakola nga bwʼagambiddwa. Malayika nʼamugamba nti, “Kale, yambala omunagiro gwo ongoberere.” Awo Peetero nʼagoberera malayika. Naye ekiseera kino kyonna ngʼalowooza nti alabye kwolesebwa, nga tayinza kukitegeera nti byonna ebyali bimutuukako mu kaseera ako byaliwo ddala. Ne bayita ku bakuumi abasooka nʼabookubiri ne batuuka ku luggi olunene olwʼekyuma olufuluma mu kkomera nga luggukira mu kibuga. Luno ne lweggulawo lwokka, ne bayitamu. Bwe baatambulako akabanga mu luguudo mu kibuga, amangwago malayika nʼamuleka. Awo Peetero bwe yeddamu nʼalyoka ategeera bwe bibadde, nʼagamba nti, “Ntegeeredde ddala nga Mukama yatumye malayika we nʼanziggya mu mukono gwa Kerode, era nʼamponya nʼebyʼakabi byonna Abayudaaya bye babadde bantegekedde.” Bwe yamala okukakasa ebyo munda ye, nʼatambula nʼalaga mu maka ga Maliyamu nnyina wa Yokaana Makko, abantu bangi gye baali bakuŋŋaanidde nga basaba. Awo Peetero nʼakonkona ku luggi olunene olwʼebweru, omuwala omuweereza erinnya lye Looda nʼajja okuggulawo. Naye bwe yategeera nga ddoboozi lya Peetero essanyu ne limuyitirira, nʼadduka buddusi nga nʼoluggi talugguddeewo, nʼategeeza abaali mu nju nti, “Peetero ali wabweru ku luggi!” Naye abaali mu nju ne bamuddamu nti, “Oguddemu akazoole.” Naye ne yeyongera okulumiriza nti kyʼagamba bwe kiri. Ne bagamba nti, “Oyo malayika we.” Naye Peetero nʼayongera okukonkona. Oluvannyuma ne bagenda ne baggulawo oluggi, ne bamulaba. Ne basamaalirira nnyo. Nʼabakomako basirike, nʼalyoka abategeeza byonna ebyamubaddeko, nga Mukama bwe yamusumuludde mu kkomera. Nʼabagamba nti, “Mutegeeze Yakobo nʼabooluganda bino byonna ebibaddewo.” Awo nʼafuluma nʼalaga mu kifo ekirala.
”Enkeera ekkomera ne lijjula akagugumuko ngʼabaserikale beebuuza nti, “Peetero abulidde wa?” Awo Kerode bwe yamutumya ne basanga nga taliiyo, ne bamunoonya nʼababula. Abaserikale bwe baamala okuwozesebwa nʼalagira babafulumye babatte. Oluvannyuma Kerode nʼava e Buyudaaya nʼagenda abeera e Kayisaliya.
”Kerode yali anyiigidde abantu bʼe Ttuulo nʼe Sidoni. Awo ne bamuweereza ababaka baabwe okujja okumulaba, ne bakwana omuwandiisi we Bulasito, era nʼabayamba okubatuusiza ensonga zaabwe ewa Kerode nga bamusaba emirembe, kubanga emmere eyali eriisa ebibuga byabwe byombi yali eva mu nsi ya kabaka. Awo olunaku olwategekebwa bwe lwatuuka, Kerode nʼayambala eminagiro gye egyʼobwakabaka nʼatuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka, nʼayogera eri ababaka nʼabantu bonna. Abantu bonna ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Lino ddoboozi lya Katonda so si lya muntu!” Amangwago malayika wa Mukama nʼamubonereza, nʼajjula envunyu yenna, ne zimulya nʼafa, kubanga yakkiriza abantu ne bamusinza, nʼatawa Katonda kitiibwa.
”Ekibiina kyʼabantu ne kibeeyiwako, abalamuzi ne balagira bambulwemu engoye era bakubwe emiggo. Bwe baamala okukubwa emiggo mingi, ne baggalirwa mu kkomera, era omukuumi wʼekkomera nʼakuutirwa abakuume butiribiri. Omukulu wʼekkomera bwe yafuna ebiragiro ebyo, nʼabateekera ddala mu kkomera eryʼomunda, nʼamagulu gaabwe nʼagassa mu nvuba.
”Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba nʼennyimba ezʼokutendereza Katonda, nga nʼabasibe abalala bawuliriza, amangwago ne wabaawo musisi owʼamaanyi ennyo. Emisingi gyʼekkomera ne ginyeenyezebwa, nʼenzigi zʼekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era nʼenjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri! Omukuumi wʼekkomera nʼazuukuka, nʼalaba ngʼenzigi zonna nzigule, nʼalowooza nti Abasibe bonna badduse, nʼasowolayo ekitala kye yette! Naye Pawulo nʼaleekaana nti, “Teweekola kabi!” Omukuumi wʼekkomera nʼakankana nnyo ngʼajjudde entiisa nnyingi, nʼalagira ne baleeta ettaala, nʼafubutuka nʼayingira munda, nʼagwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ngʼakankana. Awo nʼabafulumya, nʼababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?”
”Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi wʼekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.” Omukuumi wʼekkomera nʼategeeza Pawulo nti, “Abalamuzi balagidde muteebwe. Noolwekyo kaakano mugende mirembe.” Naye Pawulo nʼaddamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lwʼabantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ngʼate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!” Abaserikale abaatumibwa ne bazzaayo ebigambo eri abalamuzi. Naye bwe baawulira nti Pawulo ne Siira Baruumi ne batya nnyo. Ne bajja mu kkomera ne basaba Pawulo ne Siira bagende, ne babaggya mu kkomera ne babeegayirira babaviire mu kibuga kyabwe. Pawulo ne Siira bwe baava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Ludiya, ne bongera okubuulira abooluganda ekigambo kya Katonda nga babanyweza, nʼoluvannyuma ne basitula ne bagenda.
”Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni nʼabooluganda abamu ne babaleeta mu maaso gʼabakulu bʼekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe, era Yasooni oyo yʼabaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogwʼokuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.” Ekibiina nʼabakulu bʼekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala.
”Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ngʼabaggya mu muntu omu, nʼabasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. Nʼateekateeka amawanga agalisituka nʼagaligwa, era nʼebbanga lye galimala. Era nʼagakolera nʼensalo zaago.
”Omukulu wʼabaserikale nʼayingiza Pawulo munda mu nkambi yaabwe, nʼalagira akubwemu embooko nga bwe bamubuuza ayogere omusango gwe yazzizza oguleetedde ekibiina kyonna okwecwacwana. Bwe baali bamugalamizza nga bagenda okumusiba bamukube, Pawulo nʼabuuza omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Amateeka gabakkiriza okukuba omuntu Omuruumi nga temunnaba na kumuwozesa?” Omuserikale nʼagenda eri omuduumizi waabwe nʼamutegeeza nti, “Kiki kino kyʼogenda okukola? Omusajja ono Muruumi.” Omuduumizi wʼabaserikale nʼajja nʼabuuza Pawulo nti, “Mbulira, oli Muruumi?” Pawulo nʼamuddamu nti, “Yee, bwe kiri.” Omuduumizi wʼabaserikale nʼamugamba nti, “Nange ndi Muruumi, naye nabusasulira ensimbi nnyingi.” Pawulo nʼamuddamu nti, “Nze mwe nazaalirwa!” Abaserikale abaali beetegese okumubuuza ne baseebulukuka ne bavaawo bwe baategeera nga Pawulo Muruumi, nʼomuduumizi waabwe naye nʼatya nnyo kubanga yali alagidde okumusiba nʼokumukuba kibooko. Enkeera omuduumizi wʼabaserikale bwe yayagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya gye bamulanze, nʼasumulula Pawulo mu njegere, nʼalagira bakabona abakulu bayite Olukiiko lwʼAbayudaaya Olukulu lutuule. Nʼalagira Pawulo aleetebwe mu Lukiiko ensonga Abayudaaya gye bamuvunaana eryoke etegeerebwe.
”Awo Pawulo nʼatunuulira Olukiiko enkaliriza, nʼagamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.” Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, nʼalagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa. Pawulo nʼamugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ngʼekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ngʼolagira bankube mu ngeri eyo, so ngʼosuubirwa okugagoberera ngʼonsalira omusango?” Abo abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo ne bamugamba nti, “Bwʼotyo bwʼoyogera ne Kabona Asinga Obukulu owa Katonda?” Pawulo nʼaddamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’ ”
”Awo Pawulo bwe yalaba ngʼabamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo nʼabalala nga Bafalisaayo, nʼayogerera mu ddoboozi eryʼomwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kwʼabafu!” Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati wʼAbafalisaayo nʼAbasaddukaayo, kubanga Abasaddukaayo bagamba nti Tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza. Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi bʼamateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono kyʼakoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?” Ne beeyongera nnyo okuwakana ngʼabamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ngʼabalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi wʼabaserikale lwe yatandika okutya ngʼalaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, nʼalagira abaserikale be bagende bamubaggyeko nʼamaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe.
”Oluvannyuma lwʼennaku nga munaana oba kkumi, Fesuto nʼaserengeta mu Kayisaliya, era bwe yatuuka, enkeera nʼalagira Pawulo aleetebwe mu mbuga zʼamateeka. Awo Pawulo bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egyʼamaanyi bamuvunaane kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu bwagyo. Pawulo nʼawoza ngʼagamba nti, “Simenyanga mateeka ga Kiyudaaya nʼakamu, era siyonoonanga Yeekaalu, so sijeemeranga Kayisaali.” Fesuto, olwʼokwagala okusanyusa Abayudaaya, nʼabuuza Pawulo nti, “Oyagala okugenda e Yerusaalemi gyʼoba owoleza emisango gino mu maaso gange?” Awo Pawulo nʼaddamu nti, “Kaakano nyimiridde mu maaso gʼembuga ya Kayisaali era we nteekwa okuwozesebwa. Naawe omanyidde ddala bulungi nga bwe sirina musango gwonna gwe nazza ku Bayudaaya. Naye obanga waliwo omusango gwe nazza, ne gunsaanyiza okufa, nange sigaana kufa! Naye obanga siriiko musango, ngʼemisango gyonna Abayudaaya bano gye bankakaatikako gya bulimba bwereere, ggwe tolina kwʼosinziira wadde omuntu omulala yenna, okumpaayo gye bali okunzita. Njulidde eri Kayisaali.” Fesuto, bwe yamala okuteesaamu nʼabamuwa amagezi, nʼaddamu nti, “Nga bwʼojulidde ewa Kayisaali, kale, onootwalibwa ewa Kayisaali.”
”Ebyo ne binnemesa. Kwe kumubuuza obanga yandyagadde emisango egyo okugiwoleza mu Yerusaalemi. Naye Pawulo nʼajulira eri Kayisaali! Bwe ntyo ne mmuzzaayo mu kkomera, nteeketeeke okumuweereza eri Kayisaali.”
”Pawulo nʼaddamu nti, “Siraluse, Oweekitiibwa Fesuto. Ebigambo bye njogera bya nsonga era bya mazima. Era ebintu bino Kabaka Agulipa abitegeera, noolwekyo nnyinza okubimubuulira nga seekomoma. Era nkakasa nga tewali na kimu ku bintu bino kyʼataamanya, kubanga tebyakolerwa mu nkiso! Kabaka Agulipa, bannabbi obakkiriza? Mmanyi ngʼobakkiriza.” Agulipa nʼagamba Pawulo nti, “Onsendasenda nfuuke Omukristaayo mu kaseera kano akatono bwe kati?” Pawulo nʼaddamu nti, “Nsaba Katonda, mu kaseera katono oba mu kiseera kinene, ggwe ne bonna abampuliriza kaakano, bafuuke nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.” Awo Kabaka, ne gavana ne Berenike, nʼabalala bwe baali batudde, ne basituka ne bafuluma. Bwe badda ebbali ne bakkiriziganya ne bagamba nti, “Omusajja ono talina kyʼakoze kimusaanyiza kuttibwa wadde okusibwa mu njegere.” Agulipa kwe kugamba Fesuto nti, “Omusajja ono yanditeereddwa singa teyajulira wa Kayisaali.”
”Kubanga ekiro ekyayise, malayika wa Katonda wange gwe mpeereza, yayimiridde we ndi, nʼaŋŋamba nti, ‘Totya, Pawulo, kubanga kikugwanira okuyimirira mu maaso ga Kayisaali owozesebwe, era laba, Katonda akuwadde obuvunaanyizibwa ku abo bonna bʼoli nabo mu kyombo.’
”Bwe twatuuka mu Ruumi Pawulo nʼakkirizibwa okubeera yekka, kyokka ngʼabeera nʼomuserikale amukuuma. Awo nga wayiseewo ennaku ssatu, Pawulo nʼayita abakulembeze bʼAbayudaaya. Bwe baakuŋŋaana nʼayogera nabo nti, “Abasajja baganda bange, Abayudaaya bankwatira bwereere mu Yerusaalemi, ne bampaayo mu Baruumi, so nga sirina kyʼensobezza ku bantu, wadde ku mpisa zʼabajjajjaffe wadde obulombolombo. Abaruumi ne bampozesa, era ne baagala okunta, kubanga tebaalabawo musango gwe nzizizza gunsaanyiza kufa. Naye Abayudaaya bwe baagaana okukkiriza ensala eyo, ne mpalirizibwa okujulira ewa Kayisaali, newaakubadde nga saaliko kye mpawaabira bantu ba ggwanga lyange.
”Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda, era nʼabafuzi abaliwo Katonda ye yabalonda. Noolwekyo abawakanya abafuzi, bawakanya buyinza bwa Katonda. Era baba bawakanya kiragiro kye, bwe batyo ne beereetako bokka omusango. Kubanga abafuzi baba tebalwanyisa bikolwa birungi naye ebibi. Oyagala obutakangibwa wabuyinza, kola bulungi osiimibwe, kubanga muweereza wa Katonda ku lwʼobulungi bwo. Naye bwʼonookolanga ekibi, osaanidde otye kubanga ekitala kyʼalina si kya bwereere, kubanga muweereza wa Katonda awoolera eggwanga eri oyo akola ekibi. Noolwekyo kibagwanira okuba abawulize, si lwa busungu bwokka, naye nʼolwʼokumanya nga kye kituufu. Era kyemuva muwa omusolo kubanga abakozi abo baweereza ba Katonda nga banyiikirira emirimu gyabwe. Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, nʼowʼempooza mumuwenga empooza; nʼoyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, nʼoyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.
”Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera ebyʼamagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde agʼabafuzi abʼomu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera ebyʼamagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda nʼedda olwʼekitiibwa kyaffe; tewali nʼomu ku bafuzi abʼomulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama owʼekitiibwa.
”Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola, mu mateeka, naye byonna tebinsanira. Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola naye sigenda kufugibwa kintu na kimu.
”Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba.
”olwo enkomerero nʼeryoka etuuka, Kristo nʼakwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ngʼamaze okuzikiriza obufuzi bwonna, nʼobuyinza bwonna era nʼamaanyi gonna. Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bwʼalissa abalabe be bonna wansi wʼebigere bye.
”Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ngʼekisuubizo kyʼabasika bwe kiri.
”Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu nʼomwana we, kubanga omwana wʼomukazi omuddu talisikira wamu nʼomwana wʼomukazi owʼeddembe.” Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana abʼomukazi owʼeddembe.
”Kale nga Kristo bwe yatufuula abʼeddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo kyʼobuddu.
”Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.”
”Naye ebibala ebyʼOmwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, Obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.
”Waggulu eyo, Kristo gyʼafugira obufuzi bwonna, nʼobuyinza bwonna, nʼamaanyi gonna, nʼobwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. Katonda atadde ebintu byonna wansi wʼebigere bye, nʼafuula Kristo omutwe gwʼebintu byonna ebyʼekkanisa,
”nga mu biro biri temwamanya Kristo. Temwabalirwa mu ggwanga lya Isirayiri, era ngʼAbaamawanga, temwalina mugabo mu ndagaano ya Katonda eyʼekisuubizo. Mwali wala ne Katonda, nga nʼessuubi temulina.
”Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu nʼabatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda.
”Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, nʼabʼobuyinza, nʼamaanyi agʼensi agʼekizikiza, nʼemyoyo emibi egyʼomu bifo ebya waggulu.
”Katonda kyeyava amugulumiza, nʼamuwa erinnya erisinga amannya gonna; buli vviivi eryʼabo abali mu ggulu nʼabali ku nsi, era nʼabali wansi wʼensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
”Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva.
”Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika nʼebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba abʼobuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe.
”Mwekuumenga walemenga kubaawo nʼomu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu byʼobulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obwʼabantu nʼebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo.
”Tumanyi ngʼamateeka malungi, omuntu bwʼagakozesa mu ngeri entuufu. Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, nʼabatatya Katonda, nʼabatali batukuvu, nʼabagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era nʼabatta abantu abalala, nʼabenzi, nʼabalya ebisiyaga, abagula nʼabatunda abaddu, abalimba nʼabalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu,
”Kabaka owʼolubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe nʼemirembe. Amiina.
”Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lwʼabantu bonna. Era musabirenga bakabaka nʼabafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri.
”kwʼaliraga mu ntuuko zaakwo, aweebwa omukisa era nnannyini buyinza yekka, Kabaka wa bakabaka bonna, era Mukama wa bakama,
”Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Obanga tumwegaana era naye alitwegaana.
”Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi nʼabʼobuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi. Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna.
”Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo eyʼObwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe nʼemirembe; obutuukirivu, gwe muggo ogwʼobwakabaka bwo.
”Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogwʼentebe ya Katonda eyʼobwakabaka mu ggulu, omuweereza wʼebitukuvu, era owʼeweema eyʼokusisinkanirangamu eyʼamazima, etaazimbibwa bantu wabula Mukama.
”Nʼabalala ne basekererwa ne bakubibwa embooko nga bagezesebwa, nʼabalala ne basibwa ne bateekebwa ne mu makomera. Baakubibwa amayinja, baasalibwamu nʼemisumeeno, ne battibwa nʼekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba gʼendiga nʼagʼembuzi nga kumpi tebalina kantu, nga bali mu kwetaaga, ne banyigirizibwa, ne bayisibwa bubi, nʼensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi nga beekweka mu mpuku ne mu mpampagama zʼenjazi.
”Muwulirenga abakulembeze bammwe era mubagonderenga, kubanga obuweereza bwabwe kwe kulabirira emyoyo gyammwe, balyoke bakikole nʼessanyu nga tebeemulugunya. Kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe.
”Naye mwe muli kika kironde, bakabona bwʼobwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza nʼabayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika.
”Abaagalwa, mutegeerere ddala nti Ku nsi kuno muli bayise. Kyenva mbeegayirira mwewale okwegomba kwʼomubiri, kubanga kulwanagana nʼomwoyo. Mukuumenga empisa zammwe ennungi, abo be mubeera nabo abatakkiriza, newaakubadde baboogerako nti Ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lwʼalirabikirako. Ku lwa Mukama waffe, mugonderenga buli kiragiro kyʼabo abali mu buyinza, oba kabaka alina obufuzi obwʼoku ntikko, oba abafuzi abalala bʼatuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era nʼokusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi. Kubanga Katonda asiima mukolenga ebirungi, mulyoke musirisenga abantu abasirusiru era abatalina kye bamanyi. Mubenga ba ddembe, kyokka nga temulyesigamya ku kukola bitasaana, wabula mulikozese ngʼabaweereza ba Katonda. Mussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga nnyo abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa abafuzi. Abaddu, mugonderenga bakama bammwe, nga mubassaamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi nʼabakwatampola naye nʼabo abakambwe.
”Era yasalira omusango abaali mu bibuga byʼe Sodomu nʼe Ggomola bwe yabazikiriza, ne bisirikka mu muliro, bwʼatyo nʼalaga ebyo ebigenda okutuuka ku buli atatya Katonda. Kyokka nʼawonya Lutti, omutuukirivu, eyalumwanga ennyo olwʼobulamu obwʼabantu abo abajeemu. Olwʼokubanga yababeerangamu, buli lunaku, yalabanga era nʼawuliranga ebikolwa ebyʼobujeemu bye baakolanga, ekyo ne kimuleetera okunyolwa mu mwoyo gwe omutuukirivu.
”nʼokusingira ddala abo abagoberera okwegomba kwabwe okwʼomubiri ne banyooma abakulembeze baabwe. Tebaliiko kye batya, beerowoozaako bokka, era tebakwatibwa na nsonyi kuvuma baakitiibwa. Kyokka bo bamalayika newaakubadde be basinga abayigiriza abo amaanyi nʼobuyinza, bwe batwala ensonga ezo eri Mukama waffe tebakozesa lulimi luvuma.
”Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu.
”Mu ngeri yʼemu abo abaloota bagwagwawaza omubiri, ate oludda ne banyooma obuyinza, ne bavvoola ne bamalayika.
”Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya. Mbagaliza ekisa nʼemirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; nʼebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso gʼentebe ye eyʼobwakabaka, era nʼokuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era yʼafuga bakabaka abʼomu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe nʼomusaayi gwe, nʼatufuula obwakabaka bwʼobwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa nʼobuyinza bibeerenga eri oyo emirembe nʼemirembe. Amiina.
”Buli awangula ndimukkiriza okutuula ngʼanninaanye, ku ntebe yange eyʼobwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye.
”Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe eyʼobwakabaka ngʼetegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko. Eyali agituddeko yali ayakaayakana ngʼamayinja agʼomuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ngʼentebe eyo yeetooloddwa musoke ngʼayakaayakana nga zumaliidi. Entebe eyʼobwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe. Mu ntebe eyo eyʼobwakabaka ne muvaamu okumyansa nʼamaloboozi nʼokubwatuka. Mu maaso gʼentebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gyʼemyoyo omusanvu egya Katonda. Ne mu maaso gʼentebe eyo waaliwo ekiri ngʼennyanja eyʼendabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi nʼemabega waabyo nga biri wakati wʼentebe eyʼobwakabaka nʼokugyetooloola.
”Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa nʼettendo nʼokwebaza, Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso gʼOyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, omulamu emirembe nʼemirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso gʼentebe eyo, nga bwe bagamba nti,
”Nʼobafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda okumuweerezanga, era be balifuga ensi.” Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi nʼenkumi, nʼenkuyanja nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka awamu nʼebiramu biri nʼabakadde bali. Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omwana gwʼEndiga eyattibwa, asaanidde okuweebwa obuyinza, nʼobugagga, nʼamagezi nʼamaanyi, nʼekitiibwa, nʼettendo nʼokwebazibwa!” Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi wʼensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, nʼettendo, nʼekitiibwa, nʼamaanyi byʼOyo atudde ku ntebe yʼobwakabaka awamu nʼOmwana gwʼEndiga, emirembe nʼemirembe.”
”Oluvannyuma lwʼebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kyʼabantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina nʼenkindu mu ngalo zaabwe. Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nga bagamba nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe eyʼobwakabaka era bwa Mwana gwʼEndiga.” Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka nʼabakadde era nʼebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ngʼebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda.
”Kyebavudde babeera wano mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka eya Katonda nga bamusinza emisana nʼekiro mu Yeekaalu ye. Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, anaaberanga nabo ngʼabalabirira.
”Awo malayika owʼomusanvu nʼafuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti, “Obwakabaka bwʼensi eno kati bufuuse bwa Mukama waffe ne Kristo we, era anaafuganga emirembe nʼemirembe.” Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza nga bagamba nti, “Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna, ggwe aliwo kati era eyaliwo, kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo, Era ofuga.” “Amawanga gaakunyiigira, naye kaakano naawe kyʼekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo era kyʼekiseera okusalira abo abaafa omusango, nʼokuwa empeera abaweereza bo bannabbi, nʼabatukuvu bo, nʼabo abatya erinnya lyo abakulu nʼabato, nʼokuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.”
”Awo ne ndaba ekisolo ekikambwe nga kiva mu nnyanja, nga kirina emitwe musanvu nʼamayembe kkumi era nga kirina engule kkumi ku mayembe gaakyo, era ku buli mutwe nga kuwandiikiddwako amannya agavvoola Katonda. Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ngʼengo naye ngʼebigere byakyo biri ngʼebyʼeddubu, kyokka ngʼakamwa kaakyo kali ngʼakʼempologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo awamu nʼentebe yaakyo eyʼobufuzi era nʼobuyinza bungi.
”Ate malayika omulala owookubiri nʼamugoberera ngʼagamba nti, “Babulooni kigudde! Kigudde, ekibuga ekikulu, kubanga kyasendasenda amawanga gonna okunywa ku mwenge gwʼobusungu obwʼobwenzi bwakyo.”
”Ekibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, nʼebibuga byʼamawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe kyʼomwenge ekyʼobukambwe bwʼekiruyi kya Katonda. Buli kizinga ne kidduka era tewaali lusozi na lumu olwalabikako.
”Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu nʼajja nʼayogera nange, nʼaŋŋamba nti, “Jjangu nkulage ebigenda okutuuka ku mukazi malaaya omukulu atudde ku mazzi amangi. Bakabaka abʼoku nsi bayenda naye nʼabantu abʼoku nsi banywa omwenge ogwʼobwenzi bwe ne batamiira.”
”“Kale kyetaaga amagezi nʼokutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu omukazi kwʼatudde, era be bakabaka omusanvu. Abataano baagwa, omu yʼaliwo kaakano, naye omulala tannajja wabula bwʼanajja kimugwanira okubeerawo ekiseera kitono. Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, kyʼekyʼomunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa. “Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu nʼekisolo okumala essaawa emu. Bonna bassa kimu era baliwa ekisolo ekikambwe, amaanyi nʼobuyinza bwabwe.
”Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gwʼEndiga, kyokka Omwana gwʼEndiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.” Awo malayika nʼaŋŋamba nti, “Amazzi ge walaba omukazi omwenzi kwʼatudde, be bantu nʼebibinja byʼabantu aba buli kika nʼaba buli lulimi. Ekisolo nʼamayembe ekkumi bye walaba birikyawa omukazi oyo ne bimulumba ne bimulwanyisa, era birimuleka bwereere nga talina kyʼayambadde ne birya omubiri gwe, ne bimwokya nʼomuliro. Kubanga Katonda ye yakibiwa bituukirize ebyo bye yasiima okukola, nʼokukola nʼomwoyo gumu nʼokuwa obwakabaka bwabwe ekisolo ekyo okutuusa ekigambo kya Katonda lwe kirituukirira. Ate omukazi gwe walabye, kyʼekibuga ekikulu ekifuga bakabaka bonna abʼoku nsi.”
”Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde! Kifuuse empuku ya baddayimooni, nʼekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu, nʼekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu, nʼekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa. Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gwʼobwenzi bwe. Bakabaka abʼomu nsi bonna baayenda naye. Era abasuubuzi abʼomu nsi yonna bagaggawadde olwʼobulamu bwe obwʼokwejalabya.”
”“Bakabaka abʼomu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mwʼalyokerwa. Baliyimirira wala nga bakankana olwʼokutya era nga boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, ‘Zikisanze, Zikisanze Babulooni ekibuga ekyo ekikulu! Ekibuga ekyʼamaanyi, Kubanga mu ssaawa emu omusango gwakyo gusaliddwa.’ ”
”Awo malayika omu owʼamaanyi nʼasitula ejjinja eddene eriri ngʼolubengo nʼalisuula mu nnyanja nga bwʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Bwe kityo Babulooni, ekibuga ekikulu bwe kirisuulibwa wansi nʼamaanyi, era tekiriddayo kulabika nate emirembe gyonna.
”Mu kamwa ke mwavaamu ekitala ekyʼobwogi ekyʼokutemesa amawanga. “Alibafuga nʼomuggo ogwʼekyuma.” Alirinnya ku ssogolero lyʼomwenge ogwʼobusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna.
”Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti: “KABAKA WA BAKABAKA ERA MUKAMA WA BAKAMA.”
”Awo ne ndaba malayika omu ngʼayimiridde mu njuba ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu, mulye ennyama yʼemirambo gya bakabaka, abakulu bʼamaggye nʼabasajja abʼamaanyi, nʼegyʼembalaasi nʼegyʼabo abazeebagala, era nʼegyʼabantu bonna abaddu nʼabʼeddembe, abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa.” Awo ne ndyoka ndaba ekisolo nʼabafuzi abʼomu nsi nʼamaggye gaabwe nga bakuŋŋaanye balwanyise oyo eyali yeebagadde embalaasi, awamu nʼeggye lye.
”Balina omukisa era batukuvu abalizuukirira mu kuzuukira okusooka. Kubanga okufa okwokubiri tekuliba na maanyi ku bo, balibeera bakabona ba Katonda ne Kristo era balifugira wamu ne Kristo okumala emyaka egyo olukumi.
”Awo ne ndaba entebe eyʼobwakabaka enjeru nʼOyo eyali agituddeko. Ensi nʼebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. Ne ndaba abafu abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, nʼekitabo ekirala kyʼekitabo ekyʼobulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ngʼebikolwa bye bwe byali. Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, nʼokufa nʼAmagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu nʼasalirwa omusango, ngʼebikolwa bye bwe byali.
”Oyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka nʼagamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era nʼaŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!” Nʼaŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ezʼamazzi amalamu, agʼobuwa.
”Awo malayika nʼandaga omugga ogwʼamazzi agʼobulamu agamasamasa ngʼendabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe eyʼobwakabaka eya Katonda, nʼeyʼOmwana gwʼEndiga, nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ezʼomugga kwaliko emiti egyʼobulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi nʼebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala ebyʼengeri endala; nʼamakoola gaagwo nga gakozesebwa ngʼeddagala okuwonya amawanga. Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe eyʼobwakabaka eya Katonda nʼeyʼOmwana gwʼEndiga ziribeera eyo, nʼabaddu be balimuweereza, era banaalabanga amaaso ge, nʼerinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe. Teribaayo kiro, noolwekyo ettaala oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda yʼanaabaakiranga era banaafuganga emirembe nʼemirembe.
”