18 – Abayigiriza ab’obulimba

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Abayigiriza ab’obulimba.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Naye waaliwo ne bannabbi abʼobulimba mu bantu, era nga bwe walibaawo abayigiriza abʼobulimba mu mmwe. Baliyingiza mu nkiso enjigiriza enkyamu etwala abantu mu kuzikirira. Balyegaana ne Mukama waffe, ne beereetako okuzikirira okwa mangu. Abantu bangi baligoberera empisa zaabwe ezʼobukaba ne bavumaganyisa ekkubo eryʼamazima; balibafunamu amagoba mangi nga bakozesa ebigambo ebyʼobulimba olwʼomululu gwabwe. Abo Katonda yabasalira dda omusango era nʼokuzikirizibwa kwabwe tekubuusibwabuusibwa.

Weewaawo ebbaluwa ze zirimu bingi ebizibu okutegeera, kyokka buli lwʼawandiika aba ayogera ku nsonga ezo; wabula bo abatamanyi era abatali banywevu babinnyonnyola nga bwe bannyonnyola ebyawandiikibwa ebirala ne beereetako okuzikirira.

Naye nnabbi anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, oba aneetulinkirizanga nti Ayogera mu linnya lyange, songa si Nze mmulagidde okubyogera, nnabbi oyo wa kufa.”

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 328 ebitundu

Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ezʼomu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti ‘Temulyanga ku muti gwonna ogwʼomu nnimiro!’” Omukazi nʼaddamu omusota nti, “Tulya ku buli muti ogwʼomu nnimiro, kyokka Katonda yatulagira nti, ‘Temulyanga ku kibala kyʼomuti oguli wakati mu nnimiro, wadde okugukwatako, muleme okufa.’ ” Naye omusota ne gugamba omukazi nti, “Temugenda kufa. Kubanga Katonda amanyi nga lwe muligulyako amaaso gammwe lwe galizibuka, era mulifaanana nga ye, okumanyanga ekirungi nʼekibi.”

Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino kyʼokoze?” Omukazi nʼaddamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.” Mukama Katonda nʼagamba omusota nti, Kubanga okoze kino okolimiddwa okukira ensolo zonna ezʼawaka nʼezʼomu nsiko, oneekululiranga ku lubuto lwo era onoolyanga nfuufu ennaku zonna ezʼobulamu bwo. Nteeka obulabe wakati wo nʼomukazi, ne wakati wʼezzadde lyo nʼezzadde lyʼomukazi; ezzadde lye linaakubetentanga omutwe, naawe onoolibojjanga ekisinziiro.

Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olwʼebibi bya bakitaabwe nʼebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna ogwʼabo abankyawa. Naye abo enkumi nʼenkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo. ”

“Tosaasaanyanga ŋŋambo. Teweegattanga na muntu mubi, ngʼowa obujulirwa obwʼobulimba bulyoke bumuyambe. “Tokolagananga na kibiina kyʼomanyi nga bye kiriko bikyamu. Bwʼobanga owa obujulirwa mu musango, tokkirizanga kusikibwa kibiina ne kikuweesa obujulizi obwʼobulimba nga weekubira ku ludda lwe kiriko;

“Tobbanga, era tokumpanyanga, era temulimbagananga.

Togendanga ngʼosaasaanya eŋŋambo mu banno. Tokolanga kintu kyonna ku munno ekiyinza okumuleetera okufiirwa obulamu bwe. Nze Mukama.” “Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ngʼasobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye.

Katonda si muntu, nti ayinza okulimba, oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye. Ayogera nʼatakola? Asuubiza nʼatatuukiriza?

Mwerabirako nʼamaaso gammwe gennyini ebyo byonna Mukama bye yakola e Baali Peoli. Abo bonna mu mmwe abaagoberera, era ne basinza Baali e Peoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza;

“Noolwekyo mwegenderezenga nnyo, mukolenga nga Mukama Katonda wammwe bwʼabalagidde; mulemenga okukyama okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono.

Onojjukiranga emyaka gino gyonna amakumi ana Mukama Katonda gyʼazze ngʼakukulembera okukuyisa mu ddungu alyoke akugezese, akukakkanye obeere muwombeefu omwetoowaze, era yeekkaanye mu mutima gwo alabe obanga onookwatanga amateeka ge. Era yakukkakkanya nʼakulumya enjala, nʼakuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda.

Noolwekyo osaana okitegeere mu mutima gwo nti, Ngʼomusajja bwʼakangavvula mutabani we, ne Mukama Katonda wo bwʼakukangavvula. “Onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo ngʼotambuliranga mu makubo ge, era ngʼomutya, ngʼomussaamu ekitiibwa.

Mwegenderezenga nnyo, mulemenga okukyama ne mubula, ne muweerezanga bakatonda abalala era ne mubavuunamiranga.

Kibagwanidde okunyiikiranga okukolanga buli kintu kye mbalagira, tokyongerangako wadde okukikendeezangako.

Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu nʼakutegeeza ebyʼomu maaso nga yeeyambisa ebirooto, nʼalangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo byʼanaabanga alangiridde ne bituukirira, nʼalyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe bʼotomanyangako), towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi wʼebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala nʼomutima gwammwe gwonna nʼemmeeme yammwe yonna.

Naye nnabbi anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, oba aneetulinkirizanga nti Ayogera mu linnya lyange, songa si Nze mmulagidde okubyogera, nnabbi oyo wa kufa.”

Oyinza okwebuuza nti, “Tunaamanyanga tutya ngʼebigambo ebyo Mukama Katonda si yʼanaabanga abyogedde?” Ebigambo nnabbi byʼanaayogeranga mu linnya lya Mukama bwe bitaatuukirirenga oba bwe bitaabenga bya mazima, ngʼebigambo ebyo Mukama Katonda si yʼabyogedde. Nnabbi oyo byʼanaabanga ayogedde anaabanga abiyiiyizza buyiiya. Ebyo tebibatiisanga.

Kubanga obujeemu buli ngʼekibi ekyʼokusamira, era nʼobukakanyavu buli ngʼekibi ekyʼokusinza bakatonda abalala. Kubanga ojeemedde ekigambo kya Mukama, naye akugaanye okuba kabaka.”

Ku nkomerero ne wavaayo omwoyo ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nnaamusendasenda.’ “Mukama nʼabuuza nti, ‘Mu ngeri ki?’ Omwoyo ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda nfuuke omwoyo ogwʼobulimba mu mimwa gya bannabbi be bonna.’ Mukama nʼaddamu nti, ‘Ojja kusobola okumusendasenda, genda okole bwʼotyo.’ “Kale nno, Mukama atadde omwoyo omulimba mu mimwa gya buli nnabbi wo era Mukama amaliridde okukusaanyaawo.”

Ku nkomerero, omwoyo ogumu ne gusembera, ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nzija kumusendasenda.’ “Mukama nʼagubuuza nti, ‘Ekyo onookikola otya?’ “Ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda, mbeere omwoyo omulimba mu kamwa ka buli nnabbi we.’ “Mukama nʼagugamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda, era genda okole bwʼotyo.’ “Kale nno Mukama atadde omwoyo ogwʼobulimba mu kamwa ka bannabbi bo, era Mukama akwogeddeko kabi keereere.”

Awo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe nʼayogera nabo ngʼayita mu babaka be, ngʼasaasira abantu be nʼekifo mu abeera. Naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda, ne banyoomanga nʼebigambo bye, ne basekereranga bannabbi be, okutuusa obusungu bwa Katonda bwe bwabuubuukira ku bantu be awatali kubasaasira.

Naye mmwe mumpayiriza; muli basawo abatagasa mmwe mwenna!

Lwaki amawanga geegugunga nʼabantu ne bateganira obwereere okusala enkwe? Bakabaka abʼensi bakuŋŋaanye, nʼabafuzi ne bateeseza wamu ku Mukama ne ku Kristo we, nga bagamba nti, “Ka tukutule enjegere zaabwe, era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.” Naye Katonda oyo atuula mu ggulu, abasekerera busekerezi, nʼenkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.

Abalimba bonna obazikiriza; Mukama akyawa abatemu era nʼabalimba.

Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa; emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere. Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde: akamwa kaabwe koogera bya bulimba.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Aboogera bwe batyo boonoonefu, bakola ebitasaana tekuli nʼomu ku bo akola kirungi. Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi ngʼasinziira mu ggulu, okulaba obanga mulimu mu bo ategeera, era abanoonya Katonda. Naye bonna bakyamye boonoonese; teri akola kirungi, era teri nʼomu.

Akamwa kaabwe akayogera ebyʼobulimba kasirisibwe, kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo, nga babyogeza amalala nʼokunyooma.

Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana, nʼakamwa ko kaleme okwogera ebyʼobulimba.

Naye omubi Katonda amugamba nti, Lekeraawo okwatulanga amateeka gange, nʼendagaano yange togyogerangako. Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa, nʼebigambo byange tobissaako mwoyo.

Oteekateeka enkwe ezʼokuzikiriza. Olulimi lwo lwogi nga girita era buli kiseera lwogera bya bulimba. Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi, nʼokulimba okusinga okwogera amazima. Osanyukira nnyo okwogera ebirumya. Ggwe olulimi kalimbira! Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna; alikusikula, akuggye mu maka go; alikugoba mu nsi yʼabalamu.

Byʼayogera bigonvu okusinga omuzigo, so nga mu mutima gwe alowooza lutalo; ebigambo bye biweweera okusinga amafuta, so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.

Amalala gaabwe nʼebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe, nʼebigambo byʼoku mimwa gyabwe leka byonna bibatege ngʼomutego. Kubanga bakolima era ne boogera ebyʼobulimba.

Atayogera mazima taabeerenga mu nnyumba yange. Omuntu alimba sirimuganya kwongera kubeera nange.

Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo; weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.

Nkyawa era ntamwa obulimba, naye amateeka go ngʼagala.

Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, naye abasirusiru banyooma amagezi nʼokulagirirwa.

Mulituusa ddi mmwe abʼamagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga byʼamagezi, nammwe abʼamalala okunyoomanga ebyʼamagezi nʼabasirusiru okukyawanga okumanya? Kale singa muwuliriza okunenya kwange, laba, ndifuka omutima gwange nʼebirowoozo byange mu mmwe.

Weesige Mukama nʼomutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka. Mukama mukulembezenga mu byʼokola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga nʼowangula. Amagezi go tegakusigulanga, naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.

Weewalire ddala ebyʼobubambavu era nʼokwogera ebyaswakaba.

Amaaso go gatunulenga butereevu, era otunulenga nʼobumalirivu eyo gyʼolaga. Ttereeza bulungi amakubo go; okwate amakubo ageesigika gokka. Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono; ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.

Waliwo ebintu mukaaga Mukama byʼakyawa, weewaawo musanvu ebyʼomuzizo gyʼali. Amaaso agʼamalala, emimwa egirimba, okuttira abantu obwereere; Omutima ogutegeka okukola ebibi, ebigere ebyanguwa okukola ebibi, obujulizi obwʼobulimba, nʼomuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.

Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa, nʼoyo abuulirira omukozi wʼebibi yeeretera kuvumibwa. Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye nenya owʼamagezi naye anaakwagalanga. Yigirizanga owʼamagezi naye aneeyongeranga okuba nʼamagezi, yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.

“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era nʼokumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna, naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.

Mukama akyawa emimwa egirimba, naye asanyukira abʼamazima.

Omujulizi owʼamazima talimba, naye owʼobulimba ayogera bya bulimba. Omukudaazi anoonya amagezi nʼatagalaba, naye okumanya kwanguyira omuntu ategeera. Teweeretereza muntu musirusiru, kubanga tewali byʼamagezi biva mu kamwa ke.

Omujulizi owʼamazima awonya obulamu bwʼabantu, naye omujulizi owʼobulimba aba mulimba.

Omunyoomi tayagala kunenyezebwa, era teeyeebuuza ku bʼamagezi.

Omubi assaayo omwoyo eri ebyʼobulimba, era nʼomulimba awuliriza olulimi olukuusa.

Omujulizi owʼobulimba talirema kubonerezebwa, era oyo ayogera ebyʼobulimba taliba na buddukiro.

Omujulizi owʼobulimba talirema kubonerezebwa, nʼoyo ayogera ebyʼobulimba alizikirira.

Goba omunyoomi, entalo zinaagenda, ennyombo nʼokuvumagana binaakoma.

Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo, so akamwa ko tekalimbanga.

Okunenya mu lwatu, kisinga okwagala okukisibbwa. Okunywegera kwʼomulabe kwandiba okungi, naye ebiwundu byʼokunenya kwʼowoomukwano tebitiisa.

Omufuzi bwʼawuliriza ebyʼobulimba, abakungu be bonna bafuuka babi.

Buli kigambo kya Katonda kya mazima, era aba ngabo eri abo abamwesiga. Toyongeranga ku bigambo bye, alemenga okukunenya naawe olabike ngʼomulimba.

Obwatiikirivu bwʼerinnya eddungi businga ebyʼakawoowo ebirungi; nʼolunaku olwʼokufa lusinga olwo olwʼokuzaalirwako.

Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi, kubanga bwʼati Mukama bwʼayogera nti, “Nayonsa ne ndera abaana naye ne banjeemera. Ente emanya nannyini yo nʼendogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo, naye Isirayiri tammanyi, abantu bange tebantegeera.” Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi, abantu abajjudde obutali butuukirivu, ezzadde eryabakola ebibi, abaana aboonoonyi! Balese Mukama banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri, basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega. Lwaki mweyongera okujeema? Mwagala mwongere okubonerezebwa? Omutwe gwonna mulwadde, nʼomutima gwonna gunafuye.

Naye abeewaggula nʼabakozi bʼebibi balizikirizibwa wamu, nʼabo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.

Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi nʼekirungi ekibi, abafuula ekizikiza okuba ekitangaala, nʼekitangaala okuba ekizikiza, abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera nʼekiwoomerera okuba ekikaawa. Zibasanze abo abeeraba ngʼabalina amagezi, era abagezigezi bo nga bwe balaba.

Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda owʼEggye, nze Mutukuvu, nze gwe muba mutya, era gwe muba mwekengera. Olwʼobutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa, era alibeera omutego era ekyambika eri abʼomu Yerusaalemi.

Tudde eri amateeka nʼobujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.

Ngʼogudde okuva mu ggulu, ggwe emunyeenye eyʼenkya, omwana wʼemambya! Ngʼotemeddwa nʼogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga! Wayogera mu mutima gwo nti, “Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emunyeenye za Katonda; era nditeeka entebe yange waggulu ntuule ku lusozi olwʼokukuŋŋaanirako ku njuyi ezʼenkomerero ezʼobukiikakkono; ndyambuka okusinga ebire we bikoma, ndyoke nfuuke ngʼoyo ali waggulu ennyo.” Naye ossibbwa wansi emagombe, ku ntobo yʼobunnya. Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga bakwewuunye nga bagamba nti, “Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi, ngʼanyeenyanyeenya obwakabaka!

Abamisiri baliggwaamu omwoyo era entegeka zaabwe zonna ndizitta; era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, nʼabasamize, nʼabaliko emizimu nʼabalogo.

Ne bano nabo batagala olwʼomwenge, era bawabye olwʼekitamiiza; Bakabona ne bannabbi batagala olwʼekitamiiza, era bawabye olwʼomwenge; bawabye olwʼekitamiiza, batagala ne bava mu kwolesebwa, era tebasalawo nsonga.

Mukama agamba nti, “Abantu bano bansemberera nʼakamwa kaabwe, ne banzisaamu ekitiibwa nʼemimwa gyabwe, naye ngʼemitima gyabwe gindi wala. Okunsinza kwe bansinza, biragiro abantu bye baayigiriza.

Mufuula ebintu ne birabika ngʼomubumbi alowoozebwa okwenkanankana nʼebbumba. Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti, “Teyankola”? Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti, “Talina kyʼamanyi”?

Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera, nʼabo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.

Weewaawo bano bantu bajeemu, baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.

Bagamba abalabi nti, “Temuddayo kufuna kwolesebwa,” Nʼeri bannabbi boogera nti, “Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu. Mututegeeze ebitusanyusa, mulagule ebituwabya. Muve mu kkubo lino, mukyame muve ku luguudo luno, mulekeraawo okututegeeza ku Mutukuvu wa Isirayiri.” Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Olwʼokugaana obubaka buno, ne mwesiga okunyigirizibwa, ne mwesiga omulimba, ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu, alimu enjatika era azimbye, okutemya nʼokuzibula ngʼagudde.

asazaamu abalaguzi bye balagudde era abalogo abafuula abasirusiru. Asaabulula ebyʼabagezi nʼafuula bye balowoozezza okuba ebyʼobusirusiru.

Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso, bonna tebalina magezi, bonna mbwa ezitasobola kuboggola, zibeera mu kuloota nakugalaamirira ezaagala okwebaka obwebasi. Embwa ezirina omululu omuyitirivu ezitakkuta. Basumba abatayinza kutegeera, bonna abakyamye mu makubo gaabwe; buli muntu ngʼafa ku kwenoonyeza kyʼanaalya.

Muzannyira ku ani? Ani gwe mukongoola ne mumusoomooza? Temuli baana ba bujeemu, ezzadde eryobulimba?

Kubanga ennyumba ya Isirayiri nʼennyumba ya Yuda zifuukidde ddala njeemu gye ndi,” bwʼayogera Mukama. Boogedde ebyʼobulimba ku Mukama ne bagamba nti, “Talina kyajja kukola, tewali kabi kanaatugwako, era tetujja kulaba wadde kitala oba kyeya. Bannabbi mpewo buwewo era ekigambo tekibaliimu; noolwekyo leka kye boogera kikolebwe ku bo.”

Ekigambo ekyʼekitalo era ekyʼekivve kigudde mu nsi: Bannabbi bawa obunnabbi obwʼobulimba, bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala. Naye ku nkomerero munaakola mutya?”

“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu, buli omu alulunkanira kufuna. Nnabbi ne kabona bonna boogera ebyʼobulimba. Ekiwundu kyʼabantu bange bakijjanjaba ngʼekitali kyʼamaanyi. Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’ So nga tewali mirembe.

Buli muntu alimba muliraanwa we era tewali nʼomu ayogera mazima. Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu. Mubeera wakati mu bulimba; mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,” bwʼayogera Mukama Katonda.

Olulimi lwabwe kasaale akatta, lwogera bya bulimba, buli muntu ayogeza mirembe nʼakamwa ke, naye mu mutima gwe ategeka kumutega.

Awo Mukama nʼalyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi bawa obunnabbi obwʼobulimba mu linnya lyange, sibatumanga wadde okubalagira okwogera nabo. Babategeeza okwolesebwa okwʼobulimba nʼobunnabbi obutaliimu, nʼobutaliimu bwʼemitima gyabwe. Noolwekyo, bwʼatyo bwʼayogera Mukama, ebikwata ku bannabbi abategeeza ebyobunnabbi mu linnya lyange wadde nga sibatumanga, era abagamba nti, ‘Ekitala nʼenjala tebijja kujja mu nsi eno.’ Bannabbi abo bennyini bajja kuzikirizibwa ekitala nʼenjala.

Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge, era alina omutima oguva ku Katonda.

Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etawonyezeka. Ani ayinza okugutegeera? Nze Mukama nkebera omutima, ngezesa emmeeme, okuwa buli muntu ngʼamakubo ge bwe gali, ngʼebikolwa bye bwe biri.

Ebikwata ku bannabbi: omutima gwange gwennyise mu nda yange amagumba gange gonna gakankana, nninga omusajja omutamiivu, ngʼomusajja afugiddwa omwenge, ku lwa Mukama nʼebigambo bye ebitukuvu.

“Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda, ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,” bwʼayogera Mukama. “Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseerera era bajja kusuulibwa mu kizikiza era eyo gye baligwira. Ndibaleetako okuzikirira mu mwaka gwe balibonerezebwamu,” bwʼayogera Mukama.

Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi ndabye ekintu ekibi ennyo. Bakola ebyʼobwenzi ne batambulira mu bulimba. Bagumya abo abakozi bʼebibi ne wataba nʼomu ava mu kwonoona kwe. Bonna bali nga Sodomu gye ndi; abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.” Noolwekyo, bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye ebikwata ku bannabbi nti, “Nzija kubaliisa emmere ekaawa banywe amazzi agʼobutwa, kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi, obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”

Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼeggye nti, “Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza: babajjuza essuubi ekyamu. Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe, so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda. Bagamba abo abannyooma nti, ‘Mukama Katonda agamba onoobeera nʼemirembe.’ Abo abagoberera obukakanyavu bwʼemitima gyabwe babagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’

Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma okutuusa ngʼamaze okutuukiriza ekigendererwa kyʼomutima gwe. Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi. Situmanga bannabbi bano, songa bagenda badduka nʼobubaka buno, era sogeranga nabo, songa bategeeza obunnabbi.

“Mpulidde bannabbi aboogera ebyʼobulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ Kino kinaakoma ddi mu mitima gyʼabo bannabbi bʼobulimba, abategeeza ebyʼobulimba ebiva ku mitima gyabwe? Balowooza nti Ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali. Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, nʼoyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki nʼeŋŋaano?” bwʼayogera Mukama. “Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ngʼennyondo eyasaayasa olwazi?” bwʼayogera Mukama.

“Weewaawo,” bwʼayogera Mukama, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bwʼatyo Mukama bwʼagamba.’ Ddala ddala ndi mulabe wʼabo abawa obunnabbi bwʼebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange nʼobulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano nʼakatono,” bwʼayogera Mukama.

Nnabbi, oba kabona oba omuntu yenna bwʼagamba nti, “Buno bwe bubaka bwa Mukama,” Nzija kubonereza omusajja oyo nʼabʼomu maka ge. Kino buli omu kyʼanagamba mikwano gye oba abʼeŋŋanda ze. “Mukama, azeemu ki? Oba kiki Mukama kyʼayogedde?” Naye temuddayo kugamba nti, “Buno bwe bubaka bwa Mukama,” kubanga buli kigambo kya muntu kifuuka bubaka bwe era mukyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Mukama owʼEggye, Katonda waffe.

Naye era mujja kugamba nti, “Buno bwe bubaka Mukama bwatutumye,” wadde nga nabagamba nti, Temusaanye kwogera nti, “Buno bwe bubaka bwa Mukama,” kyenaava mbagobera ddala mu maaso gange ne mu kibuga ekyo kye nabawa, mmwe ne bakitammwe. Ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo, nʼensonyi ezʼolubeerera ebitagenda kwerabirwa.

Noolwekyo bannabbi bammwe, nʼabalaguzi, nʼabavvuunuzi bʼebirooto, temubawuliriza wadde abalogo wadde abafumu ababagamba nti, ‘Temulibeera baddu ba kabaka wʼe Babulooni.’ Baabawa bunnabbi bwa bulimba obunaabaleetera okutwalibwa ewala okuva mu mawanga gammwe. Ndibagobera wala era mulizikirira.

Towuliriza bigambo bya bannabbi abakugamba nti, ‘Tolibeera muddu wa kabaka wʼe Babulooni,’ kubanga bakutegeeza bya bulimba. ‘Sibatumanga,’ bwʼayogera Mukama. ‘Bawa obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Noolwekyo, nzija kubagobera wala muzikirire, mmwe ne bannabbi ababategeeza obunnabbi.’ ” Olwo ne ŋŋamba bakabona nʼabantu bano bonna nti, “Kino Mukama kyʼagamba nti, Temuwuliriza bannabbi abagamba nti, ‘Amangu ddala ebintu byʼomu nnyumba ya Mukama bijja kukomezebwawo okuva mu Babulooni.’ Bababuulira bunnabbi bwa bulimba.

Ddala kino Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri kyʼagamba nti, “Temukkiriza bannabbi nʼabalaguzi abali mu mmwe kubalimbalimba. Temussaayo mwoyo ku birooto byabwe bye babalootolola. Babategeeza obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Sibatumanga,” bwʼayogera Mukama.

“Abantu bange babadde ndiga ezibuze; abasumba baabwe babawabizza ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi. Baava ku lusozi ne badda ku kasozi ne beerabira ekifo kyabwe ekyʼokuwummuliramu.

Bwe ŋŋamba atali mutuukirivu nti, ‘Mazima tolirema kufa,’ nʼotamulabula newaakubadde okwogera naye ngʼomulabula alekeyo engeri ze ezitali za butuukirivu asobole okuwonya obulamu bwe, omuntu oyo atali mutuukirivu alifa olwʼobutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe. Naye bwʼolirabula omuntu atali mutuukirivu, nʼatalekaayo obutali butuukirivu, newaakubadde engeri ze embi, alifa olwʼekibi kye, naye obulamu bwo bulilokolebwa.” “Ate era bwʼalireka ebikolwa bye ebyʼobutuukirivu nʼakola ebibi, ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa. Olwʼokubanga tewamulabula, alifa olwʼekibi kye. Ebikolwa ebyʼobutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa, era ndikuvunaana olwʼomusaayi gwe. Kyokka bwʼolabulanga omutuukirivu obutayonoona, nʼatayonoona, ddala ddala aliba mulamu kubanga yawulira okulabula kwo, era naawe oliba weerokodde.”

Tewaliba nate kwolesebwa kwa bulimba newaakubadde obunnabbi obusavuwaze mu bantu ba Isirayiri.

Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira ngʼagamba nti, “Omwana wʼomuntu, yogera ebyobunnabbi eri bannabbi ba Isirayiri aboogera obunnabbi kaakano. Tegeeza abo aboogera obunnabbi bwe bayiiyizza nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama. Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe ate nga tebalina kye balabye.

Isirayiri, bannabbi bo bali ngʼebibe ebitambulatambula mu bifulukwa. Temwambuse kuddaabiriza bbugwe nʼokuziba ebituli ebirimu ku lwʼennyumba ya Isirayiri, esobole okuyimirira nga ngumu mu lutalo ku lunaku lwa Mukama Katonda. Okwolesebwa kwabwe kukyamu, nʼokubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. Mukama ne bwʼaba tabatumye boogera nti, “bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde. Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera nʼokubikkulirwa okwʼobulimba, bwe mwogedde nti, “Mukama bwʼati bwʼayogera,” newaakubadde nga mba soogedde?’ ”

“ ‘Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, olwʼebigambo byo ebikyamu nʼolwʼokwolesebwa kwo okwʼobulimba, ndi mulabe wo.

Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okwʼobulimba. Tebalituula mu kibiina ekyʼabantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala zʼennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze Mukama Katonda. “ ‘Olwʼokuba nga babuzaabuza abantu bange nga boogera nti, “Mirembe,” ate nga tewali mirembe, ate bwe bazimba bbugwe omunafu, ne basiigako langi okubikka bye batazimbye bulungi, kyonoova ogamba abo ababikkirira ne langi nti bbugwe aligwa. Enkuba eritonnya nnyo, era ndisindika omuzira, nʼembuyaga ezʼamaanyi zirikunta. Bbugwe bwʼaligwa, abantu tebalikubuuza nti, “Langi gye wasiigako eruwa?” “ ‘Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Mu kiruyi kyange ndisindika kibuyaga owʼamaanyi, ne mu busungu bwange ndisindika omuzira, ne mu bukambwe obungi enkuba ennyingi ennyo eritonnya okukizikiriza. Ndimenya bbugwe gwe mwasiiga langi musaasaanye ku ttaka, nʼomusingi gwe gusigale nga gwasaamiridde. Bwʼaligwa, alikugwiira nʼozikirizibwa, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda. Ndimalira ekiruyi kyange ku bbugwe ne ku abo abaakisiiga langi, nga ŋŋamba nti, “Bbugwe agenze, era abaamusiiga langi nabo balugenze, abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera ebyʼobunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa owʼemirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bwʼayogera Mukama Katonda.” ’

“Kaakano omwana wʼomuntu, amaaso go gateeke ku bawala bʼabantu bo aboogera ebyʼobunnabbi bye bayiiyizza. Bawe obunnabbi, oyogere nti,

Kubanga wanakuwaza abatuukirivu nʼobulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olwʼokuleetera abakozi bʼebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, nʼowonya obulamu bwabwe, kyʼoliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze Mukama Katonda.’ ”

Bannabbi baakyo bakkiriza ebikolwa ebyo, nga babalimba nʼokwolesebwa okukyamu nʼokuwa obunnabbi obwʼobulimba, nga boogera nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda,” so nga Mukama tayogedde.

Mukama Katonda kyava ayogera nti, “Kubanga olowooza ngʼoli mugezi, ngʼoli mugezi nga katonda, kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba, abʼomu mawanga agasinga obukambwe, ne basowola ebitala byabwe eri obulungi nʼamagezi go, ne boonoona okumasamasa kwo.

nʼalaba ekitala nga kijja eri ensi, nʼafuuwa ekkondeere ngʼalabula abantu, awo omuntu yenna bwʼaliwulira ekkondeere nʼatalabuka ekitala bwe kirijja ne kigyawo obulamu bwe, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye. Kubanga yawulira ekkondeere nʼatalabuka, omusaayi gwe kyeguliva gubeera ku mutwe gwe ye. Singa yakola nga bwe yalabulwa yandiwonyezza obulamu bwe. Naye omukuumi bwʼalaba ekitala nga kijja nʼatafuuwa kkondeere okulabula abantu, ekitala ne kijja ne kigyawo obulamu bwʼomu ku bo, omuntu oyo aliggyibwawo olwʼobutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana omukuumi.”

“Omwana wʼomuntu, nkufudde omukuumi owʼennyumba ya Isirayiri, Noolwekyo wulira kye nkugamba, obalabule. Bwe ŋŋambanga omukozi wʼebibi nti, ‘Ggwe omwonoonyi, mazima olifa,’ nʼotoyogera okumulabula okuleka ekkubo lye, omwonoonyi oyo alifa olwʼebibi bye, naye omusaayi gwe ndiguvunaana gwe. Naye bwʼolabulanga omwonoonyi okuleka ekkubo lye, nʼajeema, alifiira mu bibi bye, naye ggwe oliba olokodde obulamu bwo.”

Ate bwe ndigamba omwonoonyi nti, ‘Mazima ddala olifa,’ naye nʼakyuka okuleka ebibi bye, nʼakola ebyalagirwa era ebituufu, era bwʼalisasula ebbanja lye, nʼazaayo ne bye yabba, nʼatambulira mu mateeka agaleeta obulamu, nʼatayonoona, mazima ddala aliba mulamu, talifa.

“Naye ate abantu abʼensi yo boogera nti, Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya, so nga ate ekkubo lyabwe lye litali lya bwenkanya. Omuntu omutuukirivu bwʼalikyuka okuva mu butuukirivu bwe nʼakola ebibi, alifa olwʼebibi bye. Ate omukozi wʼebibi bwʼalikyuka okuleka obutali butuukirivu bwe nʼakola ebyalagirwa era ebituufu, aliba mulamu olwʼebyo byʼakoze. Naye mmwe ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya’. Naye ndibasalira omusango buli muntu amakubo ge nga bwe gali.”

“Omwana wʼomuntu, yogera ebyobunnabbi eri abasumba ba Isirayiri, obagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isirayiri abeefaako bokka. Abasumba tebasaanye kuliisa ndiga? Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye temufaayo ku bisibo. Ennafu temuzizzaamu maanyi, so nʼendwadde temuzijjanjabye, so nʼezirumizibbwa temusibye biwundu byazo, so nʼezibuze temuzikomezzaawo, naye muzifuze nʼamaanyi. Kyezaava zisaasaana, kubanga tezaalina musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo enkambwe zonna ezʼomu nsiko. Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.

Nga bwe ndi omulamu, bwʼayogera Mukama Katonda, olwʼendiga zange okufuuka omuyiggo, nʼekyokulya eri ensolo enkambwe zonna, kubanga tezirina musumba, ate era nʼabasumba ne batazinoonya, naye ne beefaako bokka, ne bataliisa ndiga zange, kale mmwe abasumba muwulire ekigambo kya Mukama; Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Nnina ensonga ku basumba, era ndibavunaana olwʼekisibo kyange. Ndibaggyako okulabirira endiga mulekeraawo okuzifuula ekyokulya. Ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe, zireme okuba ekyokulya kyabwe.

“ ‘Nammwe ekisibo kyange, bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ndisala omusango wakati wʼendiga emu ne ginnaayo ne wakati wʼendiga ennume nʼembuzi.

“ ‘Mukama Katonda kyava abagamba nti, Laba, nze kennyini ndisala omusango wakati wʼendiga ensava nʼendiga enkovvu. Kubanga mwewaana nga muyimusa ebifuba ne musindikiriza ennafu zonna ne muzitomera nʼamayembe gammwe okutuusa lwe muzifulumya ebweru, Ndiwonyawo ekisibo kyange so teziriba nate muyiggo. Ndisala omusango mu bwenkanya wakati wʼendiga nʼendiga.

Wanneewanirako, nʼoteekuma, kyokka ne nkuwulira.

Abantu bange bazikiridde olwʼobutamanya.” “Kyemunaava mulema okubeera bakabona bange; era olwʼokulagajjalira etteeka lya Katonda wo, nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.

Abantu bange beebuuza ku kikonge kyʼomuti, ne baddibwamu omuti. Omwoyo ogwʼobwenzi gubasendasenda ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.

Bwʼatyo bwʼayogera Mukama nti, “Bannabbi ababuzaabuza abantu balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa, naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo. Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa, nʼenzikiza ebajjire awatali kulagulwa. Enjuba erigwa nga bannabbi balaba, nʼobudde bubazibirire. Abalabi baliswazibwa nʼabalaguzi bakwatibwe ensonyi. Bonna balibikka amaaso gaabwe kubanga Katonda tabaanukula.”

Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira, bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize, ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa. Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti, “Mukama tali naffe? Tewali kinaatutuukako.”

Bino bye bintu bye munaakolanga: buli muntu ayogerenga bya mazima ne muntu munne, musalenga emisango mu bwenkanya mu mpya zammwe; tosaliranga muliraanwa wo lukwe. So tolayiranga bya bulimba, kubanga ebyo byonna mbikyawa,” bwʼayogera Mukama.

Kubanga bakatonda abalala nʼabalaguzi balaba okwolesebwa okwʼobulimba; ne baloota ebirooto ebyʼobulimba, ne bagumya abantu ebyʼobulimba. Abantu kyebava bazuŋŋana ngʼendiga, nga banyigirizibwa olwʼobutaba na musumba.

‘Zimusanze omusumba wange ataliiko kyʼagasa agayaalirira ekisibo! Ekitala kifumite omukono gwe ogwa ddyo, kiggyemu nʼeriiso lye erya ddyo! Omukono gwe gukalire ddala, nʼeriiso lye erya ddyo lizibire ddala!’ ”

“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi nʼomwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bwʼayogera Mukama owʼEggye. Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde ebyʼobulimba mu linnya lya Mukama.” Bwʼaliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga. “Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olwʼokwolesebwa kwe okwʼobulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe ekyʼebyoya okulimba abantu. Aligamba nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi bulimi; era mu nnimiro mwe nkoledde emirimu gyange obulamu bwange bwonna.’

“Kubanga emimwa gyʼabasumba gisaana okukuuma ebyʼamagezi ebya Katonda era abantu basaana okunoonya okutegeera okuva mu bo, kubanga be babaka ba Mukama owʼEggye. Naye mwakyama ne muva mu kkubo; mwesittaza bangi olwʼebyo bye muyigiriza; mwayonoona endagaano ya Leevi,” bwʼayogera Mukama owʼEggye. “Noolwekyo nabafuula ekinyoomebwa era ekisekererwa mu maaso gʼabantu bonna olwʼobutagoberera makubo gange era musala emisango nga musaliriza.”

Balina omukisa abayigganyizibwa olwʼobutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obwʼomu ggulu bwe bwabwe.” “Mulina omukisa mmwe, bwe banaabavumanga, ne babayigganya, ne baboogerako ebibi ebya buli ngeri, ne babawaayiriza, nga babalanga nze. Musanyuke era mujaguze kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, ne bannabbi abʼedda bwe baayigganyizibwa bwe batyo.”

“Temulowooza nti Najja okuggyawo amateeka ga Musa oba ebya bannabbi. Sajja okubiggyawo wabula okubituukiriza. Ddala ddala mbagamba nti Eggulu nʼensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira. Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, nʼayigiriza nʼabalala okukola bwe batyo, yʼalisembayo mu bwakabaka obwʼomu ggulu.

“Ofaayo ki ku kati akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba? Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bwʼoggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.” “Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. Nʼembizzi temuzisuuliranga mayinja agʼomuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, nʼoluvannyuma zikyuke zibalume.”

“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene nʼomulyango mugazi, nʼabalonda ekkubo eryo bangi. Kubanga omulyango mufunda, nʼekkubo eridda eri obulamu ffunda, era nʼabaliraba batono.”

“Mwekuume abayigiriza abʼobulimba, abajja nga bambadde amaliba gʼendiga, songa munda gyʼemisege egigenda okubataagulataagula.

Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro. Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”

“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obwʼomu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala. Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga ebyʼobunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola nʼebyamagero bingi mu linnya lyo.’ Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”

Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana wʼOmuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja.

Kyenva njigiriza mu ngero, abalaba baleme okulaba, nʼabawulira baleme okuwulira wadde okutegeera. Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti, ‘Muliwulira naye temulitegeera nʼokulaba muliraba naye temulimanya.

“Noolwekyo muwulirize olugero Lwʼomulimi eyasiga ensigo. Ensigo eyagwa ku mabbali gʼekkubo efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo kya Katonda nʼatakitegeera era omulabe Setaani nʼajja nʼakimusikulako okuva ku mutima. Ensigo eyagwa ku lwaziyazi efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo amangwago nʼakyaniriza nʼessanyu, naye olwʼokuba nga talina mmizi mu ye, wa kaseera buseera, ennaku nʼokuyigganyizibwa bwe bijja olwʼekigambo, amangwago nʼagwa. Nʼensigo eyagwa mu maggwa efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kwʼebintu byʼensi nʼobugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala. Naye ensigo eyagwa ku ttaka eddungi efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo nʼakitegeera, nʼabalira ddala ebibala, nʼabala ebibala amakumi asatu, oba nkaaga oba kikumi.”

Naye Yesu naye nʼababuuza nti, “Lwaki mumenya amateeka ga Katonda, nga mwerimbika mu bulombolombo bwammwe?

‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa.’ Naye emitima gyabwe gindi wala. ‘Okusinza kwabwe kwa bwereere. Kubanga bayigiriza amateeka abantu ge beekoledde.’ ”

Naye Yesu nʼaddamu nti, “Buli kisimbe Kitange ali mu ggulu kyʼataasimba kigenda kusimbulwa. Noolwekyo mubaleke. Bakulembeze abazibe bʼamaaso. Bafaanana omuzibe wʼamaaso akulembera muzibe munne, kubanga bombi bagenda kugwa mu bunnya.”

Kale lwaki temutegeera nti Mbadde ssoogera ku migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa ekyʼAbafalisaayo nʼAbasaddukaayo.” Ne balyoka bategeera nti yali tayogera ku kizimbulukusa kya migaati naye yali ayogera ku njigiriza yʼAbafalisaayo nʼAbasaddukaayo.

Naye Yesu nʼakyukira Peetero nʼamugamba nti, “Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu.”

“Muganda wo bwʼakusobyanga ogendanga gyʼali nʼomutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bwʼakkirizanga nʼakwetondera olwo ngʼoggyeemu omuntu mu muganda wo. Naye bwʼagaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bwʼabantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. Naye bwʼagaananga okubawuliriza ngʼensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza wʼomusolo.

Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, nʼabagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa?

Awo Yesu nʼayogera eri ebibiina nʼabayigirizwa be ngʼagamba nti, “Abawandiisi nʼAbafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa. Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba. Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo nʼokugezaako tebagezaako kukwatako nʼengalo yaabwe. “Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba.

Baagala nnyo ebifo ebyʼoku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo ebyʼekitiibwa mu makuŋŋaaniro. Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu nguudo zʼomu kibuga nʼokuyitibwa ‘Labbi.’ “Temweyitanga ‘Labbi,’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda. Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo. Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo. Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe. Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.

“Zibasanze mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo. Bannanfuusi mmwe! Muziyiza abantu abalala okuyingira mu bwakabaka obwʼomu ggulu, ate nammwe ne mutayingira. “Bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulowoozesa abantu nti Muli batuukirivu nga musaba essaala, so ngʼate mwekyusa ne mugobaganya bannamwandu mu mayumba gaabwe. Zibasanze bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Kubanga mutambula okwetooloola ennyanja ne ku lukalu musobole okukyusa omuntu, naye bwʼakyuka, mumufuula mwana wa ggeyeena okusingawo emirundi ebiri.

“Zibasanze, mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muwaayo ekirabo ekyʼekitundu ekyʼekkumi ku buli kantu okutuukira ddala ne ku kalagala akasinga obutono, naye ne mulagajjalira ebintu ebisinga obukulu ebyʼamateeka, ngʼobwenkanya, nʼokusaasira nʼokukkiriza. Weewaawo musaanidde okuwaayo ekitundu ekyʼekkumi, naye ebintu ebirala ebisinga obukulu temusaanidde kubiragajjalira. Mmwe abakulembeze abazibe bʼamaaso! Musengejja akabu muleme kukanywera mu mazzi, naye ne munyweramu eŋŋamira! “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kwʼekikopo ne kungulu kwʼebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu nʼokwefaako mwekka. Mmwe Abafalisaayo abazibe bʼamaaso! Musooke mulongoose munda wʼekikopo olwo nno mulongoose ne kungulu. “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulabika ngʼamalaalo agatemagana kungulu, songa munda gajjudde amagumba gʼabafu nʼobuvundu obwa buli ngeri. Mulabika ngʼabantu abatuukirivu kungulu, songa munda mujjudde obunnanfuusi nʼobumenyi bwʼamateeka.

“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muzimbira bannabbi amalaalo, ne mutimba ebijjukizo, byʼabatuukirivu, ne mulyoka mugamba nti, ‘Naye ddala singa twaliwo mu biseera bya bajjajjaffe tetwandisizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gwʼabannabbi.’ Bwe mwogera mutyo muba mwessaako omusango nga bwe muli abaana bʼabo abatta bannabbi. Mugenda nga mutuukiriza ebyo bajjajjammwe bye bataamaliriza. “Mmwe emisota! Abaana bʼembalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena? Kyenva mbaweereza bannabbi, nʼabasajja abʼamagezi, nʼabawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, nʼabalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe. Bwe mutyo omusango gwʼokutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu nʼekyoto, ne gubasingira ddala.

Yesu nʼabaddamu nti, “Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba. Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo’, era balirimba bangi.

Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, nʼabalala baliryamu bannaabwe olukwe, nʼabalala ne bakyawagana. Era bannabbi abʼobulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi. Olwʼobujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola.

Kubanga bakristo abʼobulimba balijja ne bannabbi abʼobulimba nabo balijja ne bakola ebyamagero ebyʼekitalo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye nʼabalonde ba Katonda. Laba mbalabudde nga bukyali!”

Eggulu nʼensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”

Awo Yesu nʼasemberera abayigirizwa be nʼabategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo nʼokutuukira ddala ensi lwʼeriggwaawo.”

Omusizi asiga ekigambo yʼasiga. Ate ensigo ezaagwa ku mabbali gʼekkubo, be bawulira ekigambo, amangwago Setaani nʼajja nʼakibatwalako. Ate ensigo ezaagwa ku kyaziyazi, gyʼemitima gyʼabantu abawulira ekigambo amangwago ne bakyaniriza nʼessanyu. Naye tebalina mirandira, babeera bulungi okusooka, naye olutuukibwako ebizibu oba okuyigganyizibwa olwʼekigambo amangwago babivaako. Ate endala ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, naye okweraliikirira nʼokusikirizibwa ebyʼobugagga nʼokwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala. Ettaka eddungi gyʼemitima gyʼabantu abawulira ekigambo ne bakkiririza ddala era ne bavaamu ebibala, emirundi amakumi asatu, abalala emirundi nkaaga, nʼabalala kikumi.”

Yesu nʼabaddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Nnabbi Isaaya yaboogerako bulungi ebyobunnabbi bwe yagamba nti, ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe tegindiiko. Okusinza kwabwe tekuliimu nsa; kubanga bayigiriza bulombolombo bwabwe.’

Muleka ebiragiro ebiva eri Katonda ne mugoberera obulombolombo bwʼabantu.” Nʼabagamba nate nti, “Munyooma ekiragiro kya Katonda, ne muggumiza obulombolombo bwammwe.

Kubanga walibaawo bakristo bangi abʼobulimba, ne bannabbi bangi abʼobulimba abalikola ebyʼamagero nʼebyewuunyo, nga bagenderera okulimba nʼabalonde bennyini bwe kiriba kisoboka. Naye mwekuume! Kubanga mbalabudde ngʼebintu bino byonna tebinnabaawo.”

Eggulu nʼensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe nʼemirembe.”

Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ ”

Zibasanze mmwe abantu bonna bwe babawaana, kubanga bwe batyo bajjajjammwe bwe baayisa bannabbi aboobulimba.”

Awo Yesu nʼabagerera olugero luno nti, “Ddala ddala omuzibe wʼamaaso ayinza okukulembera muzibe munne? Bombi tebajja kugwa mu kinnya? Omuyizi tasaana kusinga amuyigiriza, kyokka bwʼaba ngʼatendekeddwa bulungi, buli muntu aliba ngʼomusomesa we.”

“Kale, amakulu gʼolugero olwo ge gano: Ensigo kyʼekigambo kya Katonda. Ensigo ezaagwa ku mabbali gʼekkubo, be bawulira ekigambo, naye Setaani nʼajja nʼakibaggyako mu mutima gwabwe, si kulwa nga bakkiriza ne balokolebwa. Ezaagwa ku lwazi be bawulira ne basanyukira ekigambo, kyokka ne kitaba na mizzi. Be bakkiriza, naye okugezesebwa bwe kujja ne bagwa. Ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, naye okweraliikirira nʼobugagga nʼamasanyu gʼomu bulamu ne bibazisa, ne bataleeta bibala bikuze bulungi. Naye ezaagwa ku ttaka eddungi be bantu abalungi era abeesigwa, era bakuuma ekigambo ku mitima ne babala ebibala nʼobugumiikiriza.

Kubanga tewali kintu na kimu ekyakwekebwa ekitalikwekulwa, era tewali na kimu ekitalimanyibwa mu Lwatu. Noolwekyo mwegendereze nga muwuliriza, kubanga oyo alina alyongerwako; naye oyo atalina, nʼekyo kyʼalowooza nti alina kigenda kumuggyibwako.”

Naye kyangu eggulu nʼensi okuggwaawo okusinga nʼakatundu kʼennukuta emu eyʼamateeka okuggwaawo.

Yesu nʼaddamu nti, “Mwekuume muleme kulimbibwalimbibwa. Kubanga bangi balikozesa erinnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo.’ Naye temubakkirizanga.

Eggulu nʼensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.

Kyokka Yesu teyabeesiga, kubanga amanyi abantu bonna, kubanga yamanya bwʼafaanana, nga teyeetaaga kubuulirwa muntu kyali.

Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya lyʼOmwana oyo omu yekka owa Katonda. Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa.

Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era nʼabo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Katonda Mwoyo nʼabo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.”

Awo Yesu kwe kubaddamu nti, “Nze sibayigiriza byange ku bwange, wabula ebyʼoyo eyantuma. Buli ayagala okukola Katonda byʼayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda.

Ku mmwe tekuliiko nʼomu akwata mateeka. Kale lwaki musala amagezi okunzita?” Ekibiina kyʼabantu ne baddamu nti, “Oliko dayimooni! Ani asala amagezi okukutta?”

Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogwʼensonga.”

Awo Yesu nʼayongera okwogera nʼekibiina, nʼagamba nti, “Nze Musana gwʼensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga nʼomusana ogwʼobulamu.”

Awo Yesu nʼagamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala. Era mulitegeera amazima, nʼamazima galibafuula ba ddembe.”

Lwaki temutegeera bye njogera? Kubanga temwagala kuwulira bigambo byange. Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe byʼayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bwʼayogera ebyʼobulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe wʼabalimba.

Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”

Awo Yesu nʼagamba nti, “Najja mu nsi okusala omusango, abatalaba balabe, ate naabo abalaba babe bazibe ba maaso.” Abamu ku Bafalisaayo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ebigambo ebyo ne bamubuuza nti, “Kyʼogamba nti naffe tuli bazibe ba maaso?” Yesu nʼabaddamu nti, “Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi. Naye kubanga mugamba nti Tulaba, ekibi kyammwe kyekiva kibasigalako.”

“Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ngʼayingira mu kisibo kyʼendiga, naye nʼalinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi. Naye ayingirira mu mulyango, ye musumba wʼendiga. Era oyo omuggazi amuggulirawo, nʼendiga ziwulira eddoboozi lye, aziyita amannya gaazo nʼazifulumya ebweru. Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye. Omulala gwe zitamanyi, tezimugoberera, zimudduka buddusi kubanga tezimanyi ddoboozi lye.”

Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bwʼalaba omusege nga gujja adduka nʼaleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya. Akola atyo kubanga mupakasi, so nʼendiga tazifaako.

Kyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza. Ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire ekigamba nti, “Mukama ani akkiriza bye tugamba? Ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?” Kyebaava batakkiriza kubanga nnabbi Isaaya yayongera nʼagamba nti, “Katonda yabaziba amaaso, era nʼabakakanyaza emitima, amaaso gaabwe galeme okulaba, era nʼemitima gyabwe gireme okutegeera, era gireme okukyuka, mbawonye.”

Kyokka buli agaana Nze era nʼagaana nʼebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olwʼenkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza.

Yesu nʼaddamu nti, “Nze kkubo, nʼamazima nʼobulamu. Tewali nʼomu ajja eri Kitange wabula ngʼayita mu Nze.

“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange,

Mwoyo owʼAmazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe.

Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gwʼalituma mu linnya lyange, bwʼalijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.

“Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo owʼamazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako.

Naye Omwoyo owʼamazima, bwʼalijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo byʼawulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo.

Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima.

Naye Peetero nʼagamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, nʼokulimba nʼolimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gwʼennimiro? Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.”

“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli.

Mwekumenga era mukuumenga nʼekisibo kyonna Mwoyo Mutukuvu mwe yabateeka okuba abalabirizi okulabiriranga Ekkanisa ya Katonda gye yeegulira nʼomusaayi gwe.

Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo. Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga. Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana nʼekiro, ne mundeeta nʼamaziga.

okuzibula amaaso gaabwe bakyuke bave mu kizikiza badde eri omusana, nʼokuva mu buyinza bwa Setaani, badde eri Katonda balyoke basonyiyibwe ebibi bafunire wamu omugabo gwa Katonda nʼabo abatukuzibwa olwʼokunzikiriza.’

Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna nʼabakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo.

Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kwʼensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo nʼobwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu byʼobutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza. Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza.

Beeyita abʼamagezi ne bafuuka abasirusiru,

Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo kyʼokusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe nʼemirembe. Amiina.

Kuba abawulira obuwulizi amateeka, si be bejjeerera eri Katonda, wabula abo abakola bye galagira, be baliweebwa obutuukirivu.

Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Olyoke otuukirire mu bigambo byo, era osinge bwʼosala omusango.”

Tewali ategeera wadde anoonya Katonda. Bonna baakyama, bonna awamu baafuuka kitagasa; tewali nʼomu akola obulungi, tewali nʼomu.” “Emimiro gyabwe giringa entaana ezaasaamiridde, nʼemimwa gyabwe gijjudde obulimba.” “Buli kigambo ekibavaamu kiri ngʼobusagwa bwʼomusota.”

Noolwekyo amateeka matukuvu, era nʼekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi.

Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange nga gunkakasa mu Mwoyo Mutukuvu,

Kubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera. Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo kyʼokugondera obutuukirivu bwa Katonda. Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza nʼamuwa obutuukirivu.

Noolwekyo okukkiriza kujja olwʼokuwulira ekigambo kya Kristo.

nga bwe kyawandiikibwa nti, “Katonda yabawa omwoyo ogwʼokubongoota, nʼaleetera amaaso gaabwe obutalaba, nʼamatu gaabwe obutawulira okutuusa leero.”

Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango.

Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, nʼebyʼesittaza ebikontana nʼokuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega. Kubanga abantu ngʼabo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi ebyʼokuwaanawaana nga balimbalimba emitima gyʼabanafu.

Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ngʼensi teyinza kumumanya ngʼeyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bwʼokubuulira Enjiri okulokola abakkiriza. Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi, naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, naye eri abaayitibwa, Abayudaaya nʼAbamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda. Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi gʼabantu, nʼobunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.

Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli. Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa. Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo. Era okubuulira kwange nʼokuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu, okukkiriza kwammwe kuleme kuba kwʼamagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.

Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera ebyʼamagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde agʼabafuzi abʼomu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera ebyʼamagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda nʼedda olwʼekitiibwa kyaffe; tewali nʼomu ku bafuzi abʼomulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama owʼekitiibwa.

Kubanga muntu ki ategeera ebyʼomuntu omulala okuggyako omwoyo wʼomuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo nʼebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda. Era kaakano ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda bye yatuwa obuwa, era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okwʼamagezi gʼabantu, naye mu bigambo Omwoyo byʼayigiriza, ebintu ebyʼOmwoyo nga bikwatagana nʼebyʼOmwoyo.

Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gyʼali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo. Naye omuntu owʼOmwoyo akebera ebintu byonna, naye tewali nʼomu amukebera. “Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama, era ani alimulagira? Kyokka ffe tulina endowooza ya Kristo.”

Kubanga tewali nʼomu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo.

Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi. Kubanga amagezi agʼensi eno, bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.” Era kyawandiikibwa nti, “Mukama amanyi ngʼebirowoozo byʼabagezi temuli nsa.”

Kale empeera yange yʼeruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olwʼomulimu ogwo nga bwe nsaanidde.

Era tetusaana kukema Kristo ngʼabamu ku bo bwe baakola, emisota ne gibazikiriza.

Naye obanga waliwo ayagala okuwakanya bino, tetulinaayo nkola nga eyo, wadde mu Kkanisa za Katonda.

Ekisooka bwe mukuŋŋaana ngʼekibiina, mwesalaasalamu ebitundu, era nzikiriza ngʼebimu ku ebyo bituufu. Naye okwesalaasalamu okwo kusaana kubeewo abatuufu balyoke bategeerekeke.

Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe. Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati nʼokunywa ku kikompe. Kubanga buli alya era anywa nga tafaayo kutegeera makulu ga mubiri gwa Mukama waffe, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga. Mu mmwe kyemuvudde mubaamu abanafu nʼabalwadde, era bangi bafudde. Naye singa tusooka okwekebera, tetwandisaliddwa musango kutusinga. Kyokka Mukama bwʼatusalira omusango aba atukangavvula tuleme kusalirwa musango awamu nʼensi.

Naye mu lukuŋŋaana njagala njogere nʼamagezi gange ebigambo bitaano abalala bye bategeera nga mbayigiriza, okusinga okwogera ebigambo omutwalo mu nnimi, bye bataategeere. Abooluganda, temulowooza bya kito. Mube ngʼabaana abato ku bikwata ku kukola ebibi, mube bakulu mu kulowooza kwammwe. Era kyawandiikibwa mu mateeka nti, “Ndyogera nʼabantu bano mu nnimi endala, nʼemimwa egyʼabalala, naye era tebalimpulira, bwʼayogera Mukama.”

kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe. Kale nga bwe kiri mu Kkanisa zʼabatukuvu zonna, abakazi basirikenga busirisi mu kuŋŋaaniro, kubanga tebakkirizibwa kwogera, wabula okukulemberwa ngʼamateeka bwe gagamba. Bwe wabangawo kye baagala okubuuza babuuzenga babbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogera mu Kkanisa. Kale mulowooza nti Ekigambo kya Katonda kyatandikira mu mmwe oba nti Mmwe be kyatuukako mwekka? Omuntu yenna alowooza okuba nnabbi oba omuntu owʼomwoyo, ategeere mu bujjuvu nti Bino bye mbawandiikira kye kiragiro kya Mukama. Naye omuntu yenna atabifaako naye si wa kufiibwako.

Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu. Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere.

Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” Mweddemu, mutambulirenga mu butuukirivu mulekeraawo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi.

Setaani alemenga okutuwangula, kubanga tumanyi enkwe ze.

Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, nʼakawoowo akʼokumanya, ke tubunyisa wonna. Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa. Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola? Tetuli ngʼabangi abakozesa ekigambo kya Katonda olwʼokwenoonyeza ebyabwe, naye ffe twogera nga tetuliimu bukuusa. Naye twogera okuva eri Katonda era mu maaso ga Katonda, kubanga twogerera mu Kristo nga tetwekomoma.

oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza bʼendagaano empya etali ya nnukuta wabula eyʼomwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.

Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga nʼokutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo. Naye nʼokutuusa leero, Musa bye yawandiika bwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikiddwako essuuka. Naye buli muntu akyuka nʼadda eri Mukama, abikkulwako essuuka eyo.

Twaleka ebikisibwa ebyʼensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza yʼomuntu mu maaso ga Katonda. Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. Katonda wʼemirembe gino yazibikira ebirowoozo byʼabo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri eyʼekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda.

kubanga ebyokulwanyisa byaffe ebyʼolutalo, si bya mubiri wabula bya maanyi mu Katonda olwʼokuwangula ebigo, nʼolwʼokuwangula endowooza, na buli kintu ekigulumivu ekyekuluntaza okusinga amagezi ga Katonda, era nga tujeemulula buli kirowoozo, kigondere Kristo, era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku bujeemu bwonna, bwe munaagonderanga ddala.

kyokka neeraliikirira nnyo ngʼantya nti Si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze nʼobutukuvu obuli mu Kristo. Bwe wabaawo omuntu ajja nʼababuulira Yesu omulala gwe tutabuulira, oba ne mufuna omwoyo omulala, gwe mutafunanga, oba ne mubuulirwa Enjiri endala gye mutabuulirwanga, mubigumiikiriza.

Abantu ngʼabo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo. Naye ekyo tekyewuunyisa, kubanga Setaani yeefuula nga malayika owʼomusana. Noolwekyo abamuweereza bwe beefuula ngʼabaweereza bʼobutuukirivu tekitwewuunyisa. Ku nkomerero bagenda kubonerezebwa ngʼebikolwa byabwe biri.

Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa.

Naye mbeewuunya kubanga mukyuka mangu okuva ku oyo, eyabayita olwʼekisa kya Kristo, naye ne mukyuka mangu okugoberera Enjiri endala. Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola nʼokukyusa Enjiri ya Kristo.

Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bwʼabuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga. Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bwʼababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga.

Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo. Kubanga abooluganda, mbategeeza nti, Enjiri gye nababuulira teyeesigamizibwa ku muntu, era nange saagiweebwa muntu wadde okusomesebwa omuntu wabula Yesu Kristo ye yagimbikkulira.

Naye olwʼabooluganda abʼobulimba abaayingizibwa mu kyama okuketta eddembe lye tulina mu Kristo Yesu, balyoke batufuule abaddu, abo tetwabawuliriza essaawa nʼemu, amazima gʼenjiri galyoke geeyongerenga mu mmwe.

Naye Peetero bwe yajja mu Antiyokiya ne mmunenya mu lwatu kubanga yali mukyamu. Kubanga abaava eri Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga nʼAbamawanga, naye bwe bajja nʼatandika okubeeyawulako ngʼatya abakomole. Abayudaaya abalala bonna ne bamwegattako mu bukuusa, ekyo ne kireetera ne Balunabba okusendebwasendebwa obukuusa bwabwe. Naye bwe nalaba nga tebatambula bulungi ngʼamazima gʼenjiri bwe gali, ne ŋŋamba Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Obanga ggwe Omuyudaaya ogoberera empisa zʼAbamawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya Abaamawanga okugobereranga empisa zʼEkiyudaaya?”

Mmwe Abaggalatiya abatalina magezi ani eyabaloga, so nga nabannyonnyola bulungi Yesu Kristo eyakomererwa ku musaalaba ne mukitegeera?

Abooluganda omuntu bwʼabanga alina ekibi kyʼakoze, mmwe abʼomwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo. Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bwʼali, yeerimbarimba.

Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, agabanirenga wamu nʼamuyigiriza ku birungi byonna byʼalina. Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu kyʼasiga era kyʼalikungula. Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.

Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ngʼabaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogwʼokuyigiriza okwʼabantu abakuusa, mu nkwe olwʼokugoberera enteekateeka eyʼobulimba. Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gwʼEkkanisa.

Ngʼomugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ngʼabatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe ebyʼobusirusiru. Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu byʼobulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu.

Mulekeraawo okulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.

Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira.

Omuntu yenna tabalimbalimbanga nʼebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera.

Edda mwali ngʼabantu abʼekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ngʼabaana abʼomusana, ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala ebyʼomusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era abʼamazima, nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe.

Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola.

Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, nʼabʼobuyinza, nʼamaanyi agʼensi agʼekizikiza, nʼemyoyo emibi egyʼomu bifo ebya waggulu.

Muyimirire nga muli banywevu, ngʼamazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ngʼobutuukirivu kye kyʼomu kifuba, nga mwambadde nʼengatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri eyʼemirembe. Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obwʼomuliro obulasibwa omubi. Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, nʼekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala ekyʼOmwoyo,

Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi nʼokutegeera, mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo,

Ebyo mbibategeeza waleme kubaawo nʼomu ababuzaabuza.

Mwekuumenga walemenga kubaawo nʼomu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu byʼobulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obwʼabantu nʼebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo.

Omuntu yenna tabalimbalimbanga nʼabanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okwʼobulimba nʼokuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ngʼanywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obwʼamagezi agʼomubiri gwe.

Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi agʼebintu ebyangu ebyʼensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ngʼabʼomu nsi? Bino bye bimu ku biragiro abʼomu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti Tokomba ku kino. Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso. Birabika ngʼebyʼamagezi mu ngeri eyʼokusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa nʼakatono mu kufuga okwegomba kwʼomubiri.

Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu owʼedda nʼebikolwa bye, ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi kyʼoyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera.

naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga.

Omuntu yenna tabalimbalimbanga mu ngeri yonna; kubanga okuggyako ngʼobujeemu busoose okujja, nʼomuntu oli owʼobujeemu, omwana wʼokuzikirira ngʼamaze okulabisibwa,

Omuntu oyo alijjira mu maanyi ga Setaani gonna nʼakola obubonero nʼebyʼamagero, ebyʼobulimba, era nʼobulimba obwa buli ngeri obwʼobutali butuukirivu eri abo abazikirizibwa, kubanga bagaana okukkiriza amazima okulokolebwa. Katonda kyava abawaayo eri okubuzibwabuzibwa okwʼamaanyi bakkirize ebyʼobulimba. Era bonna balyoke basalirwe omusango olwʼokukkiriza obulimba, ne bagaana amazima ne basanyukira okukola ebitali bya butuukirivu.

Noolwekyo abooluganda, munywererenga ku ebyo bye twabayigiriza mu bbaluwa zaffe oba mu bigambo byaffe.

Abooluganda abaagalwa, mbakuutira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo ne mu buyinza bwe, mwewalenga abagayaavu abatayagala kukola mirimu ne balemwa okugoberera ekyokulabirako kye twabateerawo.

Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakukuutira nga ŋŋenda e Makedoniya oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala. Bagambe balekeraawo okwemalira ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ezʼamannya gʼabajjajja. Ebyo byongera mpaka, mu kifo kyʼokuyigiriza abantu ebya Katonda ebiri mu kukkiriza. Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, nʼomwoyo omulungi, nʼokukkiriza okutaliimu bukuusa. Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso. Beefuula bayigiriza bʼamateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa.

ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima. Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya wʼabantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu. Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza wʼAbamawanga, mbategeeze ebyʼokukkiriza nʼebyʼamazima; njogera bituufu sirimba.

Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga nga yeewombeese. Sikkiriza mukazi kuyigiriza wadde okuba nʼobuyinza ku musajja, wabula asaana asirikenga. Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Kaawa. Era Adamu si ye yasendebwasendebwa, wabula mukazi ye yasendebwasendebwa, nʼagwa mu kibi.

Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti Mu nnaku ezʼoluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, nʼenjigiriza ya baddayimooni, nga bawubisibwa obukuusa bwʼabantu abalimba, abʼemitima egiri ngʼegyasiriizibwa ekyuma ekyengeredde.

Bwʼonootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ngʼoliisibwa nʼebigambo ebyʼokukkiriza, nʼenjigiriza ennungi gye wagoberera. Naye enfumo ezitaliimu, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiizenga okutya Katonda.

Lagiranga ebyo, era obiyigirizenga. Waleme kubaawo muntu nʼomu akunyooma olwʼobuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza. Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu nʼokubuuliriranga, nʼokuyigiriza okutuusa lwe ndijja. Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe. Ebyo biteeke mu nkola, era bissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi. Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu byʼoyigiriza era obinywerereko. Bwʼonookola bwʼotyo olyerokola ggwe wennyini, era nʼabo abakuwulira.

Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira nʼokuyigiriza ekigambo kya Katonda. Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ente ngʼewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa.” Era nti, “Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye.”

Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu. Kyokka abo aboonoona banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye. Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde okugobereranga ebyo, nga teweekubira wadde okusaliriza. Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi byʼabalala; weekuumenga ngʼoli mulongoofu.

Omuntu yenna bwʼayigirizanga mu ngeri endala, nga takkiriziganya na bigambo ebya Mukama waffe Yesu Kristo ebireeta obulamu nʼokugobereranga enjigiriza eyʼokutya Katonda, aba ajjudde okwekuluntaza era aba taliiko kyʼategeera naye aba aguddemu akazoole akʼokubuzaabuza mu buli kintu, nʼokuwakana ku buli kigambo nʼekivaamu bwe buggya, nʼokuyomba, nʼokuvuma, nʼokuwaayira, nʼokukaayana. Ebyo bikolebwa abantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina mazima, abalowooza ngʼokufuna amagoba kwe kutya Katonda.

Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa. Weewalenga ebigambo ebivvoola, era ebitaliimu nsa, nʼempaka ezʼebigambo ebiyitibwa ebyʼamagezi naye nga bya bulimba, abantu abamu ge balowooza okuba nago, ne basubwa ekigendererwa mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe.

Ebyo bijjukizenga abantu ngʼobakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutalina mugaso, nga bakyamya abo abawuliriza.

Fubanga okweraga ngʼosiimibwa Katonda, ngʼoli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo eryʼobubaka obwʼamazima. Weewalenga ebigambo ebinyooma era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi mu butatya Katonda.

Era ebigambo byabwe birisaasaana nga kookolo; mu abo mwe muli Kumenayo ne Fireeto, abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti Okuzuukira kwabaawo dda, era waliwo abamu be bakyamizza. Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era gulina akabonero kano: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama ave mu butali butuukirivu.”

Weewalenga empaka ezʼobusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu okulwana. Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, nʼokuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza, era aluŋŋamya nʼobwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima, ne bava mu mutego gwa Setaani gwe baguddemu abakozese byʼayagala, ne badda engulu mu kutegeera kwabwe.

Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, nga ba nkwe, nga baagala ebyʼamasanyu okusinga bwe baagala Katonda; nga balina ekifaananyi ekyʼokutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu abʼengeri eyo obeewalanga.

Mu abo mulimu abasensera mu mayumba ne bawamba abakazi abanafu mu mwoyo abazitoowereddwa ebibi, era abawalulwa okwegomba okubi okwa buli ngeri, abayiga bulijjo, kyokka ne batatuuka ku kutegeerera ddala amazima,

nga Yane ne Yambere abaawakanya Musa, ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina kukkiriza kutuufu. Kyokka tebaliiko gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ngʼobwa abasajja abo bwe bwamanyibwa.

Era bonna abaagala okuba mu bulamu obutya Katonda mu Kristo Yesu, banaayigganyizibwanga. Naye abakozi bʼebibi nʼabalimba abeefuula okuba ekyo kye batali balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babula.

Kyokka ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era nʼobikkiririza ddala, ngʼomanyi abaabikuyigiriza bwe bali. Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula owʼamagezi, nʼolokolebwa olwʼokukkiriza Kristo Yesu. Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, omuntu wa Katonda alyoke abe ngʼatuukiridde, ngʼalina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

buuliranga ekigambo kya Katonda, ngʼoli mwetegefu mu kiseera ekituufu nʼekitali kituufu, ngʼolaga ebikwekeddwa, ngʼonenya, ngʼozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, nʼokubonaabona okungi, nʼokuyigiriza. Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olwʼokugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira. Baligaana okuwuliriza ebyʼamazima, ne bagoberera enfumo obufumo.

Ateekwa okuba omuntu anywerera ku kigambo ekyesigwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, nʼokulaga obukyamu bwʼabo abagiwakanya. Kubanga waliwo bangi abawakana, aboogera ebitaliimu era abalimba, nʼokusingira ddala abo abʼomu bakomole. Basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitabagwanidde, balyoke beefunire amagoba agʼobukuusa. Omu ku bo, nnabbi waabwe bo kyeyava agamba nti: “Abakuleete balimba bulijjo, zʼensolo enkambwe, era ba mululu ate bagayaavu.” Kye yagamba kya mazima. Noolwekyo oteekwa okubanenya nʼamaanyi kiryoke kibaleetere okukkiriza okutuufu, balekeraawo okuwuliriza enfumo ezʼEkiyudaaya, nʼebiragiro abantu abakyama okuva ku mazima bye bagunja. Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu, naye eri abo abatali balongoofu nʼabatakkiriza, tewaba kirongoofu na kimu. Kubanga amagezi gaabwe nʼebirowoozo byabwe byayonooneka. Bagamba nti Bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu, tebasaanira kuweebwa mulimu mulungi nʼakatono.

Naye ggwe yogeranga ebyo ebitayawukana na njigiriza entuufu. Kubirizanga abasajja abakulu babe bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abajjudde okukkiriza, okwagala nʼokugumiikiriza.

Abakazi abakulu nabo bakubirize bwʼotyo babe nʼempisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi, balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga babbaabwe awamu nʼabaana baabwe. Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.

Nʼabavubuka bakubirizenga babe beegendereza, mu bintu byonna, ngʼobeera ekyokulabirako ekirungi mu byonna byʼokola, ngʼoli mwesimbu era assaayo omwoyo mu kuyigiriza kwo. Buli kyʼoyogera kiteekwa okuba nga tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo awakanya alyoke aswale, nga talina kibi kya kukwogerako.

Era kubirizanga abaddu bawulirenga bakama baabwe era babagonderenga mu byonna, nga tebabawakanya, wadde okubabbangako ebyabwe. Wabula babenga beesigwa ddala mu byonna, nga beeyisa bulungi, abantu balyoke bayaayaanire okuyigiriza kwa Katonda Omulokozi waffe mu buli ngeri yonna.

Naye weewalenga empaka ezʼobusirusiru, nʼokukaayana ku nkalala eziraga obuzaale bwʼabantu, nʼennyombo, nʼentalo ebikwata ku mateeka; kubanga tebiriiko kye bigasa era tebiriimu nsa. Omuntu ayawulayawula mu bantu bwʼomalanga okumulabula omulundi ogusooka, era nʼogwokubiri, omwewalanga, kubanga omuntu ngʼoyo aba amaze okukyamizibwa mu kibi, era nga yeesalira yekka omusango.

Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si ku lwa nga tuwaba ne tubivaako. Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era nʼajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira, ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira.

Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogwʼobutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu.

Era baani abo Katonda be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Si abo abataagonda? Era tulaba nga baalemwa okuyingira olwʼobutakkiriza bwabwe.

Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala ekyʼobwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme nʼomwoyo, nʼennyingo nʼobusomyo, era kyawula ebirowoozo nʼokufumiitiriza kwʼomutima. Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.

Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi ebyʼomu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, ne bamanya obulungi bwʼekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi agʼemirembe egigenda okujja, naye ne bava ku Katonda. Baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu.

Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olwʼekibi. Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogwʼekibonerezo ekyʼomuliro ogwʼamaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda. Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza. Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era nʼomusaayi gwʼendagaano ogunaazaako ebibi nʼaguyisa ngʼogwa bulijjo, era nʼanyoomoola Omwoyo owʼekisa, talibonerezebwa nʼobukambwe obusingawo?

Buli muntu afe ku munne waleme kubeerawo nʼomu ava mu kisa kya Katonda, era mwekuume ensigo eyʼobukyayi ereme okuloka mu mmwe, bangi ne bagwagwawala. Era mwegendereze waleme okubaawo omwenzi mu mmwe wadde atatya Katonda nga Esawu eyatunda ebyobusika bwe olwʼolulya olumu. Oluvannyuma ne bwe yagezaako okusikira omukisa ogwo, teyasiimibwa, era teyafuna mukisa kwenenya newaakubadde nga yagunoonya nʼamaziga mangi.

Temusendebwasendebwanga kuyigiriza okwʼengeri ennyingi ezitamanyiddwa. Kubanga kirungi omutima okunywezebwa ekisa, so si mu byokulya ebitagasa abo ababirya.

nga mumanyi ngʼokugezesebwa kwʼokukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. Omulimu gwʼokugumiikiriza bwe gutuukirira, ne mulyoka mufuuka abatuukiridde era abakulidde ddala mu mwoyo, nga temulina kibabulako. Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba. Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye nʼatakigondera, afaanana ngʼomuntu eyeeraba mu ndabirwamu; bwʼava mu ndabirwamu, amangwago ne yeerabira nga bwʼafaananye.

Abooluganda, abayigiriza tebasaanye kubeera bangi mu mmwe, kubanga mukimanyi nga ffe tulisalirwa omusango munene okusinga abalala. Ffenna tusobya mu ngeri nnyingi. Omuntu yenna atasobya mu kwogera, aba muntu eyatuukirira, asobola okufuga omubiri gwe gwonna.

Nʼolulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya. Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala ebyʼomubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gwʼomuntu gwonna ne gwaka ngʼoluyiira okumutuusa mu kuzikirira.

Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza, naye eri abatakkiriza “Lye jjinja abazimbi lye batasaako mwoyo, lyʼeryo eryafuuka eryʼoku nsonda.” Era “Lye jjinja abantu lye beekoonako, lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe kyʼateekebwateekebwa.

Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ayagala okufuna obulamu nʼokubeera mu ddembe, aziyizenga olulimi lwe okwogera ekibi, nʼemimwa gye okwogera ebyobukuusa.

Mutyenga Mukama waffe Kristo mu mitima gyammwe. Era bulijjo mubenga beetegefu okuddamu buli ababuuza okunnyonnyola essuubi lyammwe, era muddengamu nʼobuwombeefu, awamu nʼeggonjebwa. Mubenga ba mutima mulungi, abo ababavuma era ababoogerako ekibi olwʼempisa zammwe ennungi olwʼokuba nga muli ba Kristo, balyoke baswale.

Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ngʼempologoma enjala gyʼeruma egenda ngʼewuluguma ngʼenoonya gwʼeneerya. Mumwaŋŋange ngʼabalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti Ebibonoobono ebiri ngʼebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna.

Okusooka mukimanye nga buli bunnabbi obuli mu byawandiikibwa, tewali ayinza kubunnyonnyola ku bubwe yekka. Kubanga bannabbi tebaayogeranga byabwe ku bwabwe, wabula baategeezanga ebyo Katonda bye yabalagiranga nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabibawanga.

Naye waaliwo ne bannabbi abʼobulimba mu bantu, era nga bwe walibaawo abayigiriza abʼobulimba mu mmwe. Baliyingiza mu nkiso enjigiriza enkyamu etwala abantu mu kuzikirira. Balyegaana ne Mukama waffe, ne beereetako okuzikirira okwa mangu. Abantu bangi baligoberera empisa zaabwe ezʼobukaba ne bavumaganyisa ekkubo eryʼamazima; balibafunamu amagoba mangi nga bakozesa ebigambo ebyʼobulimba olwʼomululu gwabwe. Abo Katonda yabasalira dda omusango era nʼokuzikirizibwa kwabwe tekubuusibwabuusibwa.

Era abantu bwe bategeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, ne badduka okuva mu bintu ebyo ebyʼensi ebyonoona era ebitwala abantu mu kuzikirira, ate ne bava awo ne babiddamu, bibasibira ddala era obulamu bwabwe bufuuka bubi nnyo okusinga bwe bwali okusooka. Ekyandisinze be bantu abo obutategeerera ddala kkubo lya Mukama waffe eryʼobutuukirivu, eriggya abantu mu kuzikirira, okusinga lwe bamala okulitegeera, ate ne bava ku biragiro ebitukuvu bye baaweebwa.

Weewaawo ebbaluwa ze zirimu bingi ebizibu okutegeera, kyokka buli lwʼawandiika aba ayogera ku nsonga ezo; wabula bo abatamanyi era abatali banywevu babinnyonnyola nga bwe bannyonnyola ebyawandiikibwa ebirala ne beereetako okuzikirira.

Kale, mmwe abaagalwa, ebyo nga bwe mubitegedde, mwekuume muleme kukyamizibwa abantu abo abajeemu, si kulwa nga babaleetera okugwa ne muva we munyweredde. Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano nʼemirembe gyonna. Amiina.

Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gyʼali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza nʼakatono. Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima.

Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera. Kyokka oyo agamba nti amutegeera nʼatakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima. Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ngʼokwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye. Oyo agamba nti Ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.

Mbawandiikidde bino olwʼokubanga waliwo abo ababalimbalimba. Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gyʼali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu yʼabayigiriza buli kimu, era wʼamazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.

Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi abʼobulimba bangi mu nsi. Eno yʼengeri gye tutegeeramu Mwoyo wa Katonda: buli ayatula nti Yesu Kristo yafuuka omubiri, ngʼava eri Katonda, oyo yʼalina Mwoyo wa Katonda. Naye buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo ogwʼOmulabe wa Kristo, gwe mwawulira nti ajja mu nsi, era amaze okutuuka.

Bo ba nsi era boogera bya nsi, era abantu bʼensi kyebava babawuliriza. Naye ffe tuli bantu ba Katonda, era buli amanyi Katonda atuwuliriza; atali wa Katonda tatuwuliriza. Eyo yʼengeri gye tusobola okwawulamu omwoyo ogwʼamazima nʼomwoyo ogwʼobulimba.

Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.

Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bwʼatyo mulimba era mulabe wa Kristo. Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna.

Buli asukka ku ebyo Kristo byʼayigiriza nʼatabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe nʼOmwana. Omuntu yenna bwʼajja gye muli, nʼatayigiriza bwʼatyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, nʼokulamusa temumulamusanga. Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.

Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olwʼokwagala okwefuula omukulembeze tatwagala. Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu byʼakola, nʼebintu byʼatwogerako ebitali birungi, era nʼolulimi oluvuma lwʼakozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye nʼokulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.

Abaagalwa, nnali neesunga nnyo okubawandiikira ku bulokozi bwaffe bwentyo nawalirizibwa okubawandiikira nga mbazzaamu amaanyi nga mbegayirira mulwanirire okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu. Waliwo abantu abajja mu bubba, abaawandiikwako edda nga baasalirwa omusango, abatatya Katonda abajerega ekisa kya Katonda waffe, ne bakiyisaamu amaaso, ne beegaana Yesu Kristo Mukama waffe, omu yekka.

nti Mmanyi ebikolwa byo nʼokugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ngʼogezesezza abo abeeyita abatume nʼobavumbula nga balimba.

nti Mmanyi okubonaabona kwo nʼobwavu bwo, naye ngʼoli mugagga, era nʼokulimirira kwʼabo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani.

Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo abʼenjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego nʼabaliisa ennyama eyʼomuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era nʼokwenda. Ate era olinayo nʼabakkiririza mu njigiriza yʼAbanikolayiti. Noolwekyo weenenye, bwʼotookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo nʼekitala ekyʼomu kamwa kange.

Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ngʼabayigiriza obwenzi nʼokulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala.

Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ngʼoyokya oba ngʼonnyogoga. Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange. Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso nʼotomanya ngʼoli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe wʼamaaso era ali obwereere.

Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya.

Ogusota ogwo ogwʼamaanyi, era gwe gusota ogwʼedda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi nʼeggye lyagwo lyonna. Ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka mu ggulu nga ligamba nti, “Kaakano obulokozi bwa Katonda, nʼamaanyi ge nʼobwakabaka bwa Katonda waffe awamu nʼobuyinza bwa Kristo we bizze. Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe, eri Katonda waffe emisana nʼekiro, agobeddwa mu ggulu. Ne bamuwangula olwʼomusaayi gwʼOmwana gwʼEndiga, nʼolwʼekigambo ekyʼobujulirwa bwabwe, ne bawaayo obulamu bwabwe nga tebatya na kufa.

Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo muleme kwegatta mu bibi bye, muleme kubonerezebwa wamu naye.

Ekitangaala kyʼettaala ngʼeyaka tekirirabikira mu ggwe nate, kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna, era walimbalimba amawanga gonna nʼebyʼobulogo bwo.

Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi owʼobulimba eyakolanga ebyamagero ngʼekisolo kiraba; bye yakola ngʼalimbalimba abo abakkiriza akabonero kʼekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi owʼobulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja eyʼomuliro eyaka ne salufa.

Nʼakwata ogusota guli ogwʼedda, ye Setaani, nʼagusiba mu lujegere gumale emyaka lukumi, nʼagusuula mu bunnya obutakoma era nʼagusibiramu nʼateekako nʼenvumbo guleme kulimbalimba mawanga nate okutuusa ngʼemyaka olukumi giweddeko. Bwe giriggwaako, Setaani ngʼasumululwa okumala akaseera katono.

Awo Setaani eyabalimbalimba nʼasuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro eyaka ne salufa, omuli ekisolo ne nnabbi owʼobulimba era banaabonyaabonyezebwanga emisana nʼekiro emirembe nʼemirembe.

Naye abo ababi nʼabatakkiriza nʼabagwagwa, nʼabassi, nʼabenzi, nʼabalogo nʼabasinza ebifaananyi, nʼabalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja eyʼomuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo ekyʼobulamu ekyʼOmwana gwʼEndiga.

Ebweru wʼekibuga yʼebeera embwa, nʼabalogo, nʼabenzi, nʼabassi, nʼabasinza bakatonda abalala nʼabo bonna abaagala era abakola ebyʼobulimba.

Ntegeeza buli omu awulira ebigambo ebyʼobunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo byʼobunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogwʼobulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net