23 – Okwagala
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Okwagala.
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Okwagala.
“Naye mmwe abampuliriza mbagamba nti Mwagalenga abalabe bammwe, nʼababakyawa mubayisenga bulungi. Ababakolimira mubasabirenga omukisa; ababayisa obubi mubasabirenga.” “Omuntu bwʼakukubanga oluyi ku luba olumu, omukyusizanga nʼakukuba ne ku lwokubiri! Omuntu bwʼakunyagangako ekkooti yo, nʼessaati yo ogimulekeranga.
”Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda. Naye buli atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala. Katonda yatulaga okwagala kwe, bwe yatuma mu nsi Omwana we omu yekka bwʼati, tulyoke tube abalamu ku bwʼoyo. Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti Ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, nʼawaayo Omwana we ngʼomutango olwʼebibi byaffe. Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bwʼatyo naffe tuteekwa okwagalananga.
”Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe tafaayo kutya Ayinzabyonna.
”Noolwekyo omusajja kyʼanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
”Bwʼatyo Yakobo nʼakolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ngʼennaku obunaku gyʼali kubanga yamwagala nnyo.
”“Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama gyʼakuwadde.”
”“Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omulenzi, newaakubadde omuweereza we omuwala, wadde ente ye oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
”“Bwʼosanganga ente yʼomulabe wo, oba endogoyi ye, ngʼebuzze ogimuddizangayo eka. Bwʼolabanga endogoyi yʼomuntu atakwagala, ngʼomugugu gugisudde wansi, togirekanga, naye omuyambangako okugiyimusa.
”Mukama nʼayita mu maaso ga Musa nʼagamba nti, “Nze Mukama, Mukama Katonda alina ekisa nʼokusaasira okungi, atasunguwala mangu, ajjudde obwesigwa nʼokwagala okutaggwaawo.
”“Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ngʼasobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye. Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna owʼomu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala. Nze Mukama.
”Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ngʼomuzaaliranwa owʼomu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi yʼe Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
”“Munnansi munnammwe bwʼanaayavuwalanga ngʼali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe. Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bwʼatyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe. Bwʼomuwolanga ensimbi azzengawo omuwendo gwennyini gwʼomuwoze so tasukkirizangamu. Era bwʼomuguzanga emmere tossangamu magoba.
”Naye nno, Musa yali musajja muwombeefu nnyo, nga muteefu okusinga abantu bonna abaali ku nsi.
”Oyagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼomwoyo gwo gwonna, nʼamaanyi go gonna.
”Noolwekyo osaananga okukitegeeranga nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa akuuma endagaano ye eyʼokwagala okutaggwaawo eri abamwagala era abagondera ebiragiro bye okutuuka ku mirembe olukumi. Naye abo abamukyawa alibeesasuza nʼokuzikirizibwa; tagenda kulwawo kwesasuza oyo amukyawa.
”Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ngʼabawa emmere nʼebyokwambala. Kale nno, mwagalenga bannamawanga kubanga nammwe mwaliko bannamawanga mu nsi eyʼe Misiri.
”Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga ebigambo bye byʼakukuutira, nʼebiragiro bye, nʼamateeka ge ennaku zonna.
”Bwe munaagonderanga amateeka gano ge mbalagira leero: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, nʼokumuweerezanga nʼomutima gwammwe gwonna, nʼemmeeme yammwe yonna,
”towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi wʼebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala nʼomutima gwammwe gwonna nʼemmeeme yammwe yonna.
”Muwenga nʼokwagala nʼobutajuliriranga, kubanga olwʼomwoyo ngʼogwo, Mukama Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu kyʼonootuusangako engalo zo. Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti Muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.
”Buli omu anaaleetanga ekirabo kye ngʼobusobozi bwe bwe bunaabanga, nga bwesigamizibwa ku mikisa Mukama Katonda wo gyʼanaabanga akuwadde.
”Mukama Katonda wo alikomola omutima gwo, nʼomutima gwa bazzukulu bo, bwʼotyo oyagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼemmeeme yo yonna, olyoke obeerenga omulamu.
”ngʼoyagalanga Mukama Katonda wo, ngʼowuliranga eddoboozi lye, era nga weekwatira ddala ku ye. Kubanga Mukama bwe bulamu bwo nʼokuwangaala; alyoke akuwenga emyaka mingi mu nsi Mukama gye yalayirira okugiwa bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo.
”Wabula mwegendereze okukuumanga ebiragiro era nʼamateeka Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukuumanga ebiragiro bye, nʼokumunywererangako era nʼokumuweerezanga nʼomutima gwammwe gwonna era nʼemmeeme yammwe yonna.”
”Toyogera nate nga weewaanawaana wadde okuleka akamwa ko okwogera ebyʼamalala, kubanga Mukama Katonda yʼamanyi byonna, era yʼapima ebikolwa.
”Awo Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, Yonasaani nʼaba bumu ne Dawudi, era nʼamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala. Okuva ku lunaku olwo Sawulo nʼatwala Dawudi okubeera naye, nʼatamuganya kuddayo mu nnyumba ya kitaawe. Awo Yonasaani nʼatta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka. Yonasaani ne yeeyambulamu ekyambalo kye yali ayambadde nʼekanzu ye, ne yeesumulula nʼekitala kye, nʼomutego gwe nʼolukoba lwe, nʼabiwa Dawudi.
”Akalenzi bwe kaamala okugenda, Dawudi nʼavaayo mu kifo ekyʼobukiikaddyo, nʼagwa wansi mu maaso ga Yonasaani nʼamuvuunamira emirundi esatu. Ne bagwaŋŋana mu bifuba ne bakaaba, naye Dawudi ye yasinga okukaaba. Awo Yonasaani nʼagamba Dawudi nti, “Genda mirembe, kubanga fembi twelayirira omukwano mu linnya lya Mukama nga twogera nti, ‘Mukama ye mujulirwa wakati wo nange, ne wakati wʼezzadde lyo nʼezzadde lyange emirembe gyonna.’ ” Dawudi nʼagenda, ne Yonasaani nʼaddayo mu kibuga.
”Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe tafaayo kutya Ayinzabyonna.
”Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, nʼokwagala kwo okungi, kubanga byava dda. Tojjukira bibi byange nʼobujeemu bwange ebyʼomu buvubuka bwange. Onzijukire, Ayi Mukama, ngʼokwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
”Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu nʼabayigiriza ekkubo lye.
”Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala nʼamazima eri abo abagondera endagaano ye nʼebiragiro bye.
”Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna! Mukama akuuma abo abamwesiga, naye abʼamalala ababonereza mu bujjuvu.
”Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu; obwesigwa bwo butuuka ku bire. Obutuukirivu bwo bugulumivu ngʼagasozi aganene, nʼobwenkanya bwo buwanvu nnyo ngʼennyanja ennene ennyo. Ayi Mukama, olabirira abantu nʼebisolo. Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika. Abʼebitiibwa nʼabatali ba bitiibwa baddukira mu biwaawaatiro byo.
”Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama, amazima nʼokwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Alina omukisa asaasira omunaku; Mukama amulokola ku lunaku olwʼakabi. Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe, era anaamuwanga omukisa mu nsi; nʼatamuwaayo eri okwegomba kwʼabalabe be. Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde; nʼamuwonya mu bulumi.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ngʼamaze okutwala Basuseba nʼokutemula bba, Uliya. Onsaasire, Ayi Mukama, ggwe alina okwagala okutaggwaawo. Olwʼokusaasira kwo okungi nziggyaako ebyonoono byange byonna.
”Onnyanukule, Ayi Mukama olwʼobulungi bwʼokwagala kwo; onkyukire olwʼokusaasira kwo okungi.
”Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama; nʼabo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
”Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era owʼekisa, olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala nʼobwesigwa.
”Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama, nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso agʼamalala nʼomutima ogwʼamalala sijja kubigumiikirizanga.
”Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira, tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo. Taasibenga busungu ku mwoyo, era tasunguwala kumala bbanga lyonna. Tatukola ngʼokwonoona kwaffe bwe kuli, wadde okutusasula ngʼebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri. Ngʼeggulu bwe litumbidde ennyo waggulu wʼensi, nʼokwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya. Ebibi byaffe abituggyako nʼabitwala wala ngʼebuvanjuba bwʼeri ewala okuva ebugwanjuba.
”Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo emirembe gyonna, nʼobulokozi bwe eri abaana bʼabaana baabwe.
”Mwebaze Mukama, kubanga mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyosnna.
”Kale singa beebazanga Mukama olwʼokwagala kwe okutaggwaawo, nʼolwʼebyʼekitalo byʼakolera abaana bʼabantu! Kubanga abalina ennyonta abanywesa, nʼabayala abakkusa ebirungi.
”Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli; nʼobwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera. Mutendereze Mukama.
”Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa, abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
”Kale mwebaze Katonda wʼeggulu, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
”Mukama wa kisa, ajudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo. Mukama mulungi eri buli muntu, era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
”Mukama awanirira abawombeefu, naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.
”Amazima nʼekisa tobyerabiranga; byesibe mu bulago bwo, obiwandiike ku mutima gwo.
”Onoonywanga amazzi agʼomu kidiba kyo, nʼamazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga. Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo, nʼenzizi zo mu bifo ebigazi ebyʼomu kibuga? Leka bibeere bibyo wekka, bireme kugabanibwako bʼotomanyiiko nʼakamu. Kale leka ensulo yo ebeere nʼomukisa, era osanyuke ne mukazi wo owʼomu buvubuka bwo. Ngʼennangaazi eyeeyagaza nʼempeewo esanyusa, leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe. Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi, nʼogwa mu kifuba kyʼomukazi wʼomusajja omulala?
”Waliwo ebintu mukaaga Mukama byʼakyawa, weewaawo musanvu ebyʼomuzizo gyʼali. Amaaso agʼamalala, emimwa egirimba, okuttira abantu obwereere; Omutima ogutegeka okukola ebibi, ebigere ebyanguwa okukola ebibi, obujulizi obwʼobulimba, nʼomuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.
”Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi; nkyawa amalala nʼokwemanya, nʼobuteeyisa bulungi nʼenjogera eyʼobubambaavu.
”Njagala abo abanjagala, nʼabo abanyiikira okunnoonya bandaba.
”Obukyayi buleeta enjawukana, naye okwagala kubikka ku bibi bingi.
”Amalala bwe gajja, ngʼobuswavu butuuse, naye obwetoowaze buleeta amagezi.
”Omusajja alina ekisa aganyulwa, naye alina ettima yeereetako akabi.
”Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala; naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala. Omuntu agaba anagaggawalanga, nʼoyo ayamba talibulako amuyamba.
”Atakozesa kaggo akyawa omwana we, naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.
”Anyooma muliraanwa we akola kibi, naye alina omukisa oyo asaasira abaavu.
”Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda, naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.
”Okuddamu nʼeggonjebwa kumalawo ekiruyi, naye ekigambo ekyʼobukambwe kisaanuula obusungu.
”Mukama azikiriza ennyumba yʼabʼamalala, kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.
”Buli muntu alina omutima ogwʼamalala wa muzizo eri Mukama; weewaawo talirema kubonerezebwa. Olwʼokwagala nʼolwʼobwesigwa, ekibi kisasulibwa, nʼokutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.
”Amalala gakulembera okuzikirira, nʼomwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo. Okubeera nʼomwoyo ogwetoowaza era nʼokubeera nʼabaavu, kisinga okugabana omunyago nʼabʼamalala.
”Ebigambo ebirungi biri ngʼebisenge byʼomubisi gwʼenjuki, biwoomera emmeeme, ne biwonya nʼamagumba.
”Okwagala tekulondoola nsobi, naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya abʼomukwano enfirabulago.
”Omukwano ogwʼamagezi guba gwa lubeerera, era owooluganda yeesigibwa mu biro ebyʼennaku.
”Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta, era nʼabo abalwagala balirya ebibala byalwo.
”Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira, naye wabaawo owʼomukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.
”Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olwʼekikolwa kye ekyo.
”Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo, okuba omwavu kisinga okuba omulimba.
”Okukola ebituufu nʼebyʼamazima kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka. Amaaso ageegulumiza, nʼomutima ogwʼamalala, ye ttabaaza yʼababi, era ebyo kwonoona.
”Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kwʼomwavu, naye alikoowoola nga talina amwanukula.
”Agoberera obutuukirivu nʼekisa, alibeera nʼobulamu obukulaakulana nʼekitiibwa.
”Afuga akamwa ke nʼolulimi lwe, yeewoonya emitawaana. “Mukudaazi,” lye linnya lyʼabʼamalala abeeraga, abeetwalira mu kwemanya okwʼekitalo mwe batambulira.
”Omuntu omugabi anaabanga nʼomukisa, kubanga emmere ye agirya nʼabaavu.
”Goba omunyoomi, entalo zinaagenda, ennyombo nʼokuvumagana binaakoma. Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu era ayogera nʼeggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.
”Omulabe wo bwʼaba alumwa enjala, muwe emmere alye, bwʼaba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe. Kubanga oliba otuuma amanda gʼomuliro ku mutwe gwe, era Mukama alikuwa empeera.
”Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga, naye abakodowalira anaabanga nʼebikolimo bingi.
”Omuntu owʼobusungu aleeta ennyombo, nʼomuntu asunguwala amangu ayonoona nnyo.
”Amalala gʼomuntu galimuleetera okugwa, naye omuntu owʼomwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
”Waliwo ebigambo bisatu ebyʼekitalo ennyo gye ndi, weewaawo bina bye sitegeera: Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga, nʼomusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja, nʼekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja, nʼengeri omusajja gye yeeyisaamu ngʼali nʼembeerera.
”Yogereranga abo abatasobola kweyogerera, otunulenga mu nsonga zʼabo bonna abaasigala ettayo. Yogera olamulenga nʼobwenkanya, olwanirirenga abaavu nʼabali mu bwetaavu.
”Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka, kubanga obusungu bubeera munda yʼabasirusiru.
”Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna. Leka annywegere nʼemimwa gye kubanga okwagala kwo kusinga wayini, nʼamafuta go gawunya akaloosa akalungi; erinnya lyo liri ngʼamafuta agattululwa, era abawala kyebava bakwagala. Baako ne gyʼontwala, yanguwa! Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye. Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu; era tunaatendereza okwagala kwo okusinga wayini. Nga batuufu okukwegomba!
”Omwagalwa wange, nkugeraageranya nʼembalaasi esika amagaali ga Falaawo. Amatama go galabika bulungi ngʼoyambadde ebikomo ebyʼoku matu, nʼensingo yo nerabika bulungi ngʼerimu ebyʼomu bulago ebyʼomuwendo. Tunaakukolera ebyʼoku matu ebya zaabu, nga birina amapeesa aga ffeeza. Kabaka bwe yali ngʼatudde ku mmeeza ye, akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi. Muganzi wange ali ngʼensawo eya kaloosa aka mooli gye ndi, ngʼawummulidde mu kifuba kyange. Muganzi wange ali ngʼekiganda ekyʼebimuli ebya kofera ebivudde mu nnimiro ezʼemizabbibu ezʼe Engedi. Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange oli mubalagavu olabika bulungi. Amaaso go mayiba. Olabika bulungi muganzi wange, era onsanyusa. Ekitanda kyaffe kya muddo muto.
”Ndi kimuli kya Looza ekya Saloni, eddanga eryʼomu biwonvu. Ngʼeddanga mu maggwa, gwe njagala ennyo bwʼali bwʼatyo mu baweereza abakazi. Ngʼomucungwa mu miti egyʼomu kibira, aŋŋanza bwʼali bwʼatyo mu bavubuka. Neesiima okutuula mu kisiikirize kye, nʼekibala kye kimpomera. Yantwala ku kijjulo, nʼokwagala kwe ne ku mmaamira. Munzizeemu amaanyi nʼezabbibu enkalu, mumbuddeebudde nʼemicungwa kubanga okwagala kunzirisizza. Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange, nʼomukono gwe ogwa ddyo gumpambatira. Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira, ngʼempeewo nʼenjaza ezʼomu ttale, temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kweyagalidde. Wuliriza omwagalwa wange, Laba, ajja ngʼabuukirabuukira ku nsozi, ngʼazinira ku busozi. Omwagalwa wange ali ngʼempeewo oba ennangaazi ento. Laba ayimiridde emabega wʼolukomera lwaffe, Alingiza mu madirisa, alabikira mu mulimu ogulukibwa ogwʼomu ddirisa.
”Omwagalwa wange yaŋŋamba nti, “Golokoka, Owoomukwano, omulungi wange, ojje tugende, kubanga laba ttoggo aweddeko, nʼenkuba eweddeyo. Ebimuli bimulisizza, nʼebiro ebyʼokuyimba bituuse, era nʼokukaaba kwʼamayiba kuwulirwa mu nsi. Omutiini gubala ettiini zaagwo, nʼemizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo. Golokoka Owoomukwano, omulungi wange ojje tugende.” Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ezʼomu njazi, mu bwekwekero obwʼamayinja, ndaga amaaso go, ka mpulire eddoboozi lyo, kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo, nʼamaaso go gasanyusa. Tukwatire ebibe, obube obutono, obwonoona ennimiro ezʼemizabbibu, kubanga ennimiro zaffe ezʼemizabbibu zimulisizza. Muganzi wange, wange nzekka, era nange ndi wuwe; aliisiza ekisibo kye mu malanga, okutuusa obudde nga bukedde nʼebisiikirize nga biddukidde ddala; okyuke omwagalwa wange obe ngʼempeewo oba ennangaazi ento ku busozi obwʼe Beseri.
”Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi, ngʼempeewo nʼenjaza ezʼoku ttale, temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kwesiimidde. Ani oyo ajja ngʼava mu ddungu, afaanana ngʼempagi eyʼomukka, asaabye ebyakaloosa ebya mooli nʼomugavu, okuva mu byʼakaloosa byonna ebyʼomusuubuzi?
”Ngʼolabika bulungi, gwe njagala, laba ondabikidde bulungi. Amaaso go mayiba mu lugoye mwʼogabisse. Enviiri zo ziri ngʼeggana lyʼembuzi eziserengeta okuva ku lusozi Gireyaadi. Amannyo go gali ngʼekisibo kyʼendiga nga kye zijje zisalibweko ebyoya, nga ziva okunaazibwa. Buli emu nnongo eri nʼennongo ginnaayo, so tewali eri yokka. Emimwa gyo giri ngʼewuzi eyʼolugoye olutwakaavu; nʼakamwa ko kandabikira bulungi. Amatama go mu lugoye lwʼogabisseeko gali ngʼekitundu kyʼekkomamawanga. Ensingo yo eri ngʼomulongooti gwa Dawudi, ogwatereezebwa obulungi; ne ku gwo nga kuliko engabo lukumi, zonna nga ngabo zʼabasajja abalwanyi. Amabeere go gombi gali ngʼabaana bʼempeewo, abʼempeewo, nga balongo, abaliira mu malanga. Okutuusa obudde nga bukedde, nʼebisiikirize nga biweddewo, ndigenda ku lusozi olunene olwa mooli ne ku kasozi akʼomugavu. Ngʼolabika bulungi wenna, omwagalwa wange, toliiko bbala na limu.
”Osenzesenze omutima gwange, mwannyinaze, omugole wange; otutte omutima gwange, ne munye yʼeriiso lyo gyʼonkubye, nʼomukuufu ogumu ogwʼomu bulago bwo. Ngʼokwagala kwo kulungi mwannyinaze, omugole wange, okwagala kwo nga kusinga nnyo wayini, nʼakawoowo akʼamafuta go kasinga ebyʼakawoowo ebyʼengeri zonna obulungi. Emimwa gyo gitonnya obuwoomi ngʼebisenge ebyʼomubisi gwʼenjuki, omugole wange; amata nʼomubisi gwʼenjuki biri wansi wʼolulimi lwo. Akaloosa akʼebyambalo byo kali ngʼakawoowo akʼe Lebanooni. Oli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange, era oli luzzi olwasibibwa, ensulo eyateekebwako akabonero. Ebimera byo nnimiro ya mikomamawanga, erina ebibala byonna ebyʼomuwendo, ne kofera nʼemiti egyʼomugavu nʼomugavu ne kalikomu, ne kalamo ne kinamoni, nʼemiti egyʼebika byʼomugavu byonna, ne mooli ne akalosi, wamu nʼebyʼakawoowo byonna ebisinga obulungi. Oli nsulo ya nnimiro, oluzzi olwʼamazzi amalamu, olukulukuta okuva mu Lebanooni. Zuukuka gwe empewo eyʼobukiikakkono, naawe empewo eyʼobukiikaddyo jjangu. Mukuntire ku nnimiro yange, akaloosa, kaayo akalungi kasaasaane wonna, Muleke muganzi wange ajje mu nnimiro ye, alye ebibala byamu ebyʼomuwendo.
”Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange; nkuŋŋaanyiza mooli yange nʼebyʼakawoowo byange. Ndidde ebisenge byange ebyʼomubisi gwʼenjuki gwange ne nywa nʼomubisi gwange, Nywedde wayini wange nʼamata gange. Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana. Nnali ngalamidde, ngʼomutima gwange guwulira. Ne mpulira muganzi wange ngʼakonkona, nʼayogera nti, “Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange, owe wange ataliiko bbala, kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, nʼenviiri zange zibisiwadde olwʼobunnyogovu.” Nziggyeko ekkooti yange, nnaagyambala ntya nate? Nanaabye ebigere, nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira? Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo, omutima gwange ne gubuukabuuka.
”Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange, mumutegeeze ngʼokwagala kwange gyʼali bwe kunzita. Owange, kiki muganzi wo kyʼalina kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi? Kiki muganzi wo kyasinza abalala nʼokutukuutira nʼotukuutira bwʼotyo?
”Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu, atabula ne mu bantu omutwalo. Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo; nʼenviiri ze zirimu amayengo, era nzirugavu nga nnamuŋŋoona. Amaaso ge gali ngʼamayiba ku mabbali gʼemigga egyʼamazzi, agaanaazibwa nʼamata, ne gaba ngʼamayinja agʼomuwendo omungi. Amatama ge gali ngʼemisiri egyʼobuwoowo, obuleeta akaloosa akalungi. Emimwa gye giri ngʼamalanga agakulukuta mooli. Emikono gye giri ngʼemitayimbwa egya zaabu egiteekebwamu amayinja agʼomuwendo. Omubiri gwe guli ngʼamasanga amayooyote agatoneddwa ne safiro. Amagulu ge gali ngʼempagi ezʼamayinja aganyirira ezisimbibwa mu zaabu ennungi. Mu ndabika afaanana Lebanooni omulungi ngʼemivule gyayo. Enjogera ye mpomerevu, weewaawo awamu nʼebyo byonna ayagalibwa. Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange; mmwe abawala ba Yerusaalemi.
”Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe; anoonyeza mu malanga.
”Tontunuulira nnyo kubanga amaaso go gantawanya. Enviiri zo ziri ngʼekisibo ekyʼembuzi, eziserengeta okuva e Gireyaadi.
”Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto, ggwe omumbejja! Amagulu go gali ngʼamayinja agʼomuwendo, omulimu gwʼomuweesi omukalabakalaba. Ekkundi lyo kibya kyekulungirivu, ekitaggwaamu wayini omutabule obulungi. Ekiwato kyo ntuumu ya ŋŋaano eyeetooloddwa amalanga. Amabeere go gali ngʼabaana bʼempeewo, abalongo. Ensingo yo eri ngʼomunaala ogwʼamasanga. Amaaso go gali ngʼebidiba ebyʼomu Kesuboni ebiri ku mulyango ogwʼe Basulabbimu. Ennyindo yo eri ngʼomulongooti ogwʼe Lebanooni ogwolekera Ddamasiko. Omutwe gwo gukuwoomera ngʼolusozi Kalumeeri, nʼenviiri zo ziranga emiguwa egyʼeffulungu; Kabaka asendebwasendebwa ebintu byakwo. Ngʼolabika bulungi, ngʼosanyusa ggwe omwagalwa nʼobulungi bwo. Oli muwanvu ngʼolukindu, nʼamabeere go gali ngʼebirimba ebyʼebibala byakwo. Nayogera nti, “Ndirinnya olukindu, era ndikwata ebibala byalwo.” Amabeere go gabeere ngʼebirimba ebyʼoku muzabbibu, nʼakawoowo akʼomu kamwa ko ngʼebibala ebyʼomucungwa nʼakamwa ko nga wayini asinga obulungi. Ne wayini amirwe bulungi muganzi wange, ngʼakulukuta mpolampola ku mimwa gyʼabo abeebase.
”Ndi wa muganzi wange, era naye anjagala nnyo. Jjangu, muganzi wange tugende ebweru wʼekibuga, tusuleko mu byalo. Tukeere tugende mu nnimiro zʼemizabbibu, tulabe obanga emizabbibu gimulisizza, obanga nʼebimuli byagwo byanjuluzza, obanga nʼemikomamawanga gimulisizza, era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange. Amadudayimu gawunya akawoowo, ne ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebisinga obulungi, Ebyakanogebwa awamu nʼebikadde, bye nkuterekedde muganzi wange.
”Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange nʼomukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.
”Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira, temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa ngʼekiseera ekituufu kituuse. Ani oyo gwe tulengera ngʼava mu ddungu nga yeesigamye muganzi we? Nakuzuukusa ngʼoli wansi wʼomuti ogwʼomucungwa. Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.
”Nteeka ngʼakabonero ku mutima gwo, era ngʼakabonero ku mukono gwo, kubanga okwagala kwa maanyi ngʼokufa, obuggya bwakwo buli ngʼobusungu obwʼemagombe. Kwaka ngʼennimi ezʼomuliro, omuliro ogwaka nʼamaanyi ennyo. Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala nʼemigga tegiyinza kukumalawo. Singa omuntu awaayo obugagga bwe bwonna obwʼennyumba ye okufuna okwagala, asekererwa nnyo.
”Olunaku lujja okweyisa kwʼomuntu nʼamalala ge lwe birizikirizibwa, era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo. Kubanga Mukama Katonda owʼEggye alina olunaku lwʼategese eri abo bonna abʼamalala era abeewanise, eri ebyo byonna ebyʼegulumiza ebijjudde okwemanya nʼokwewulira.
”Naye omuntu owʼekitiibwa akola entegeka za kitiibwa, era ku bikolwa bye ebyʼekitiibwa kwʼanywerera.
”Nʼawaayo omugongo gwange eri abankuba, nʼamatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu. Saakweka maaso gange eri abo abansekerera nʼeri abo abanfujjira amalusu.
”Yanyoomebwa nʼagaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku nʼobuyinike. Tetwayagala na kumutunulako, ngʼomuntu gwe wandikubye amabega ngʼayitawo, bwe twamunyooma ne tutamuyitamu kabuntu. Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, nʼatwala ennaku yaffe, obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga. Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe kyali kibonerezo okuva eri Katonda. Naye yafumitibwa olwʼokusobya kwaffe. Yabetentebwa olwʼobutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera nʼemirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya. Ffenna twawaba ngʼendiga; buli omu ku ffe nʼakwata ekkubo lye; Mukama nʼamuteekako obutali butuukirivu bwaffe ffenna. Yanyigirizibwa era nʼobonyaabonyezebwa naye talina kye yanyega, yali ngʼomwana gwʼendiga ogutwalibwa okuttibwa, era ngʼendiga bwesirika obusirisi mu maaso gʼabo abagisalako ebyoya bwesirika, bwʼatyo bwe yasirika.
”Si kugabira bayala ku mmere yo, nʼokusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo; bwʼolaba ali obwereere, nʼomwambaza nʼotekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
”bwʼolyewaayo okuyamba abayala nʼodduukirira abali mu buzibu, olwo omusana gwo gulyaka nʼova mu kizikiza, ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
”Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama, ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa, okusinziira ku byonna Mukama byʼatukoledde; weewaawo ebirungi ebingi byʼakoledde ennyumba ya Isirayiri, okusinziira ku kisa kye, okusinziira ku bungi bwʼokwagala kwe okutajjulukuka.
”Mukama yatulabikira edda ngʼagamba nti, “Nkwagadde nʼokwagala okutaliggwaawo, kyenvudde nkusembeza gye ndi nʼekisa ekijjudde okwagala.
”Olwʼokwagala kwa Mukama okutaggwaawo, tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; nʼobwesigwa bwo bwa lubeerera.
”Ne nsaba Mukama Katonda wange ne mwatulira nti, “Ayi Mukama Katonda omukulu era owʼentiisa, akuuma endagaano ye so nʼokwagala kwo tekujjulukuka eri abo bonna abakwagala era abagondera ebiragiro byo,
”Era ndikwogereza ennaku zonna, ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima, ne mu kwagala ne mu kusaasira. Ndikwogereza mu bwesigwa, era olimanya Mukama.
”Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi kyʼoteekwa okukola. Kaakano, Mukama kiki kyʼakwetaaza, okuggyako okukola ebyʼensonga, okuba nʼekisa era nʼokutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.”
”Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu abʼomu nsi, abakola byʼalagira; munoonye obutuukirivu nʼobuwombeefu; mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olwʼobusungu bwe.
”Mukama Katonda ali naawe, owʼamaanyi alokola: alikusanyukira, alikukkakkanyiza mu kwagala kwe, alikusanyukira nʼokuyimba.”
”“Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, ‘Musalenga emisango egyʼensonga, mukwatirweganenga ekisa nʼokusaasiragananga buli muntu eri muganda we. Temutulugunyanga bannamwandu, nʼabatalina bakitaabwe, nʼabatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu nʼomu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’
”“Balina omukisa abaavu mu mwoyo, kubanga abo Obwakabaka obwʼomu ggulu bwe bwabwe. Balina omukisa abali mu nnaku, kubanga abo balisanyusibwa. Balina omukisa abeetoowaze, kubanga abo balisikira ensi. Balina omukisa abalumwa enjala olwʼobutuukirivu kubanga abo balikkusibwa. Balina omukisa abʼekisa, kubanga abo balikwatirwa ekisa. Balina omukisa abalina omutima omulongoofu, kubanga abo baliraba Katonda. Balina omukisa abatabaganya, kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda. Balina omukisa abayigganyizibwa olwʼobutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obwʼomu ggulu bwe bwabwe.” “Mulina omukisa mmwe, bwe banaabavumanga, ne babayigganya, ne baboogerako ebibi ebya buli ngeri, ne babawaayiriza, nga babalanga nze. Musanyuke era mujaguze kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, ne bannabbi abʼedda bwe baayigganyizibwa bwe batyo.”
”Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lwʼabakulembeze bʼAbayudaaya nʼawozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena. “Bwʼobanga oli mu maaso ga Katonda, ngʼomuleetedde ekirabo ekyʼokuwaayo nga ssaddaaka, nʼojjukira nga waliwo gwʼolinako ensonga, ekirabo kyo sooka okireke awo oddeyo omale okumwetondera mutegeeragane, olyoke okomewo oweeyo ekirabo kyo eri Katonda.
”“Mwawulira nga kyagambibwa nti, ‘Omuntu bwʼanaggyangamu eriiso lya munne nʼerirye linaggibwangamu. Oba omuntu bwʼanaaggyangamu erinnyo lya munne, nʼerirye banaalikuulangamu.’ Naye mbagamba nti, Temuwakananga na mubi, naye omuntu bwʼakukubanga oluyi ku ttama erya ddyo omukyusizanga nʼettama eryokubiri. Omuntu bwʼayagalanga okuwoza naawe atwale essaati yo, omulekeranga nʼekkooti yo. Nʼoyo akuwalirizanga okumwetikkirako omugugu gwe kilomita emu, omutwalirangako nʼeyokubiri. Akusaba omuwanga, nʼoyo ayagala okukwewolako tomukubanga mabega.”
”“Mwawulira abʼedda bwe baagambibwa nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo, naye okyawenga mulabe wo.’ Naye nze mbagamba nti, Mwagalenga abalabe bammwe! Musabirenga ababayigganya! Bwe mulikola bwe mutyo muliba baana ba Kitammwe ali mu ggulu. Kubanga omusana gwe agwakiza abalungi nʼababi, era nʼenkuba agitonnyeza abʼamazima nʼabatali ba mazima. Bwe mwagala ababaagala bokka, mufunamu ki? Nʼabawooza bwe bakola bwe batyo. Era bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaaba mulina njawulo ki nʼabalala? Kubanga ne bannamawanga bwe bakola bwe batyo. Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bwʼali Omutuukirivu.”
”“Mwegendereze, ebikolwa byammwe ebyʼobutuukirivu obutabikoleranga mu lujjudde lwʼabantu nga mwagala babasiime, kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.” “Bwʼobanga ogabira omwavu ekintu teweeraganga nga bannanfuusi bwe bakola ne basooka okufuuwa eŋŋombe mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, nga bagenda okugabira abaavu, abantu babalabe babawe ekitiibwa. Ddala ddala mbagamba nti Abo, eyo yʼempeera yaabwe. Naye ggwe bwʼobanga ogabira omuntu yenna ekintu omukono gwo ogwa kkono guleme kumanya ogwa ddyo kye gukola. Kale Kitaawo amanyi ebyama byonna alikuwa empeera.”
”“Kubanga bwe munaasonyiwanga ababasobezza, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga. Naye bwe mutaasonyiwenga bannammwe, nammwe Kitammwe ali mu ggulu taabasonyiwenga.”
”“Tewali nʼomu ayinza kuweereza baami babiri, kubanga alikyawako omu nʼayagala omulala oba aliwulirako omu nʼanyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona. ”
”“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.” “Ofaayo ki ku kati akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba? Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bwʼoggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”
”Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu babakolerenga nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”
”“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, nʼemyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo. Kubanga ekikoligo kyange kyangu, nʼomugugu gwange teguzitowa.”
”Nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ngʼabaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obwʼomu ggulu. Noolwekyo buli eyeetoowaza ngʼomwana ono omuto yʼaliba asinga obukulu mu bwakabaka obwʼomu ggulu.
”“Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bwʼaba nʼendiga ze ekikumi, emu nʼemubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi nʼagenda anoonya eri emu ebuze? Ddala ddala mbagamba nti, bwʼagiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitabuze. Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ngʼomu ku bato bano ngʼazikirira.”
”“Muganda wo bwʼakusobyanga ogendanga gyʼali nʼomutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bwʼakkirizanga nʼakwetondera olwo ngʼoggyeemu omuntu mu muganda wo.
”Awo Peetero nʼajja nʼabuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bwʼansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?” Yesu nʼamuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.”
”ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’”
”Yesu nʼamugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba nʼobugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
”“Kale nno bwe kityo bwe kiriba abooluvannyuma ne baba aboolubereberye, nʼaboolubereberye ne baba abooluvannyuma.”
”Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne. Na buli ayagala okuba owʼolubereberye mu mmwe aweerezenga banne ngʼomuddu waabwe. Mube nga Omwana wʼOmuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, nʼokuwaayo obulamu bwe okununula abangi.”
”Yesu nʼaddamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼobulamu bwo bwonna, nʼamagezi go gonna.’ Eryo lyʼetteeka eryʼolubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. Nʼeryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’
”Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe. Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.
”“Awo Kabaka nʼalyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kwʼensi. Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza, nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’ “Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala ne tukuliisa? Oba ngʼolina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? Oba ngʼoli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ngʼoli bwereere, ne tukwambaza? Twakulaba ddi ngʼoli mulwadde oba ngʼoli mu kkomera ne tukulambula?’ “Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’
”“Bwʼatyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa, nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’ “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala oba ngʼoli muyonta, oba ngʼoli mugenyi oba ngʼoli bwereere oba mulwadde oba ngʼoli mu kkomera, ne tutakuyamba?’ “Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’
”ngʼali ku mmeeza, omukazi nʼajja gyʼali ngʼalina eccupa yʼamafuta agʼakaloosa agʼomuwendo omungi, nʼagafuka ku mutwe gwa Yesu.
”Nʼabaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, nʼagwa wansi ngʼavuunise amaaso ge ku ttaka, nʼasaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bwʼoyagala.”
”Awo bwe yatuula nʼayita ekkumi nʼababiri, nʼabagamba nti, “Omuntu yenna bwʼayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza wʼabalala.”
”naye mu mmwe si bwe kiri bwe kityo. Yenna ayagala okuba omukulembeze mu mmwe, asaanira abeerenga muweereza wa banne. Ne buli ayagala okuba omwami asinga bonna obukulu nʼekitiibwa, asaana abeere muddu wa banne bonna. Nange kennyini, Kristo, sajja ku nsi kuweerezebwa, wabula Nze okuyamba abalala, era nʼokuwaayo obulamu bwange ngʼomutango okununula abangi.”
”Bwe mubanga mugenda okusaba musonyiwenga omuntu yenna gwe mulinako ensonga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ebyonoono byammwe. Naye bwe mutaasonyiwenga, ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa byonoono byammwe.”
”Era yagala Katonda wo nʼomutima gwo gwonna nʼomwoyo gwo gwonna, nʼamagezi go gonna, nʼamaanyi go gonna.’ Nʼeryokubiri lye lino nti, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewaliiwo mateeka malala gasinga ago bukulu.” Omunnyonnyozi wʼamateeka nʼagamba nti, “Omuyigiriza ekigambo kyʼoyogedde kya mazima bwʼogambye nti Waliwo Katonda omu yekka era teriiyo mulala. Era mmanyi nga kikulu nnyo okumwagala nʼomutima gwaffe gwonna, nʼokutegeera kwaffe nʼamaanyi gaffe, nʼokwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka, era ngʼekyo kikulu okusinga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.”
”Mu kiseera ekyo Yesu ngʼali Besaniya mu nnyumba yʼomusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ngʼatudde, omukazi nʼayingira ngʼalina eccupa, eyalimu amafuta agʼakaloosa agʼomuwendo omungi. Nʼayasa eccupa nʼasiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu.
”Yokaana nʼabaddamu ngʼagamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, nʼoyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”
”“Naye mmwe abampuliriza mbagamba nti Mwagalenga abalabe bammwe, nʼababakyawa mubayisenga bulungi. Ababakolimira mubasabirenga omukisa; ababayisa obubi mubasabirenga.” “Omuntu bwʼakukubanga oluyi ku luba olumu, omukyusizanga nʼakukuba ne ku lwokubiri! Omuntu bwʼakunyagangako ekkooti yo, nʼessaati yo ogimulekeranga. Omuntu yenna akusabanga omuwanga; era nʼoyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga kubikuddizza. Kye mwagala abantu okubakolera mmwe, nammwe mubakolerenga bwe mutyo.”
”“Bwe munaayagalanga abo ababaagala bokka, munaagasibwa ki? Kubanga nʼabakozi bʼebibi bwe beeyisa bwe batyo. Bwe munaayisanga obulungi abo bokka ababayisa obulungi, munaagasibwa ki? Kubanga nʼabakozi bʼebibi bwe bakola bwe batyo. Bwe munaawolanga abo bokka be musuubira okubasasula mmwe, munaagasibwangamu ki? Kubanga nʼabakozi bʼebibi bawola bakozi ba bibi bannaabwe, basobole okusasulwa omuwendo gwe gumu.
”Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe! Mubayisenga bulungi! Muwolenga nga temusuubira kusasulwa magoba. Bwʼetyo empeera yammwe eriba nnene era muliba baana bʼoyo Ali Waggulu Ennyo. Kubanga wa kisa eri abatasiima nʼabakozi bʼebibi. Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bwʼali owʼekisa.” “Temusalanga musango, nammwe muleme kusalirwa. Temusingisanga musango, nammwe muleme okusingibwa. Musonyiwenga era nammwe mulisonyiyibwa. Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, ekyʼomuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa.”
”Awo omukazi owʼomu kibuga ekyo nga mwonoonyi, eyali ategedde nga Yesu ali mu nju eyo eyʼOmufalisaayo, nʼaleeta eccupa yʼamafuta agʼakaloosa. Nʼayimirira awali Yesu, nʼakaaba, amaziga ne gatonnya ku bigere bya Yesu ne bitoba. Omukazi nʼabisiimuuza enviiri ze, era nʼabinywegera; nʼabifukako amafuta agʼakaloosa.
”“Waaliwo abantu babiri, omuwozi wʼensimbi be yali abanja. Omu yali amubanja ddinaali ebikumi bitaano, nʼomulala ddinaali amakumi ataano. Naye ku bombi nga tekuliiko asobola kusasula bbanja lye. Eyali ababanja kwe kubasonyiwa. Kale, ku bombi aluwa alisinga okumwagala?” Simooni nʼaddamu nti, “Ndowooza oyo gwe yasonyiwa ebbanja erisingako obunene.” Yesu nʼamugamba nti, “Olamudde bulungi.” Nʼalyoka akyukira omukazi nʼagamba Simooni nti, “Omukazi ono omulaba? Bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba ku bigere byange. Naye abinaazizza nʼamaziga ge nʼabisiimuula nʼenviiri ze. Tewannyanirizza na kunnywegera, naye anywegedde ebigere byange emirundi mingi okuva lwe nayingidde. Tewansiize mafuta ku mutwe gwange, naye ye asiize ebigere byange amafuta agʼakaloosa. Noolwekyo nkutegeeza nti Omukazi ono asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi, naye oyo asonyiyibwa ebitono nʼokwagala kwe kuba kutono.”
”Omunnyonnyozi wʼamateeka nʼaddamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼemmeeme yo yonna, nʼamaanyi go gonna, nʼamagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ ”
”Yesu nʼamuddamu nti, “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ngʼaserengeta e Yeriko, nʼagwa mu banyazi, ne bamukwata ne bamwambulamu engoye ze ne bazimutwalako, ne bamukuba nnyo, ne bamuleka awo ku kkubo ngʼabulako katono okufa. Awo kabona eyali tategedde nʼajjira mu kkubo eryo, naye bwe yatuuka ku musajja ngʼagudde awo ku kkubo nʼamwebalama bwebalami nʼamuyitako. Omuleevi naye yamutuukako nʼamulaba, nʼadda ku ludda olulala olwʼoluguudo, nʼamuyitako buyisi Naye Omusamaliya bwe yali ngʼali ku lugendo lwe mu kkubo eryo, nʼatuuka omusajja we yali; bwe yamulaba nʼamukwatirwa ekisa, nʼajja wʼali, nʼamunyiga ebiwundu ngʼayiwako amafuta, ne wayini ebiwundu nʼabisibako ebiwero. Awo nʼateeka omusajja ku nsolo ye nʼamutwala mu nnyumba esulwamu abatambuze, nʼamujjanjaba. Enkeera Omusamaliya nʼaddira ddinaali bbiri nʼaziwa nannyini nnyumba. Nʼamugamba nti, ‘Nkusaba omujjanjabe, era ensimbi ezizo zonna zʼolikozesa nga zino ze nkulekedde ziweddewo, ndizikuddizaawo nga nkomyewo.’ ” “Kale olowooza, ku bantu abo abasatu aluwa eyali muliraanwa wʼomusajja oli eyagwa mu banyazi?” Omunnyonnyozi wʼamateeka nʼaddamu nti, “Oyo eyamukolera ebyekisa.” Yesu nʼamugamba nti, “Naawe genda okole bwʼotyo.”
”“Bwe bakuyitanga ku mbaga eyʼobugole, teweetuuzanga mu kifo ekisinga okuba ekyʼekitiibwa kubanga singa ejjayo omugenyi akusinga ekitiibwa, eyakuyise ku mbaga ajja kumuleeta awo wʼotudde akugambe nti, ‘Viira ono atuule awo wʼotudde.’ Noolyoka ositukawo ngʼoswadde ogende onoonye ekifo ekirala emabega. “Naye bwe bakuyitanga, otuulanga mu kifo ekyʼemabega, kale nno eyakuyise bwʼajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, jjangu nkutwale mu kifo ekyʼomu maaso.’ Noolyoka osituka nga ne bagenyi banno bakuwa ekitiibwa. Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; nʼoyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
”Awo Yesu nʼakyukira eyamuyita nʼamugamba nti, “Bwʼotegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde abʼolulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bwʼokola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ngʼabakusasula. Naye bwʼofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, nʼabagongobavu, nʼabalema ne bamuzibe. Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kwʼAbatuukirivu.”
”“Bwʼatyo nʼasitula nʼaddayo ewa kitaawe. Naye bwe yali ngʼakyaliko wala nʼawaka, kitaawe nʼamulengera ngʼajja, nʼamusaasira nnyo. Kitaawe ngʼajjudde amaziga nʼamusisinkana, nʼamugwa mu kifuba nʼamunywegera. Omwana nʼagamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’ “Naye kitaawe nʼalagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze nʼengatto! Era mugende mutte ennyana eya ssava. Tufumbe embaga nnene tujaguze. Kubanga mutabani wange ono yali afudde kaakano mulamu, yali azaaye laba wuuno azaawuse.’ Embaga nʼetandika.
”“Tewali muddu ayinza kuweereza bakulu babiri. Kubanga alikyawako omu nʼayagala omulala, oba aliwulirako omu nʼanyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”
”Ne bwʼakusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi nʼajja gyʼoli nʼakwenenyeza, musonyiwenga.”
”“Mbagamba nti Omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ngʼasonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, nʼoyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
”Awo Zaakayo nʼayimirira nʼagamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”
”Nʼagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Nnamwandu oyo omwavu agabye okusinga bali abagagga bonna. Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku nsimbi ze bateetaaga, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna kyʼalina.”
”Naye mu mmwe tekisaanira kuba bwe kityo. Oyo asinga ekitiibwa mu mmwe asaana yeeyisenga ngʼasembayo, nʼomukulembeze mu mmwe asaana abeere ngʼomuweereza wammwe. Mu nsi muno omukungu yʼatula ku mmeeza abaddu be ne bamuweereza. Naye wano mu ffe nze muweereza wammwe.
”Awo Peetero nʼaddamu nti, “Mukama wange, neeteeseteese okusibirwa awamu naawe mu kkomera, era nʼokufiira awamu naawe.”
”Yesu nʼagamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
”“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye.
”Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.”
”“Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize.
”Yesu nʼakaaba amaziga. Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Ngʼabadde amwagala nnyo!”
”Awo Maliyamu nʼaddira eccupa erimu amafuta amalungi agʼakaloosa agʼomugavu, agʼomuwendo omungi, nʼagafuka ku bigere bya Yesu nʼabisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna nʼejjula akaloosa kʼamafuta ago.
”Ku lunaku olukulembera Embaga eyʼOkuyitako, Yesu yamanya ngʼekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.
”nʼateeka amazzi mu bensani, nʼatandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bwʼabasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.
”Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere. Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze. Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era nʼoyo atumibwa tasinga oli amutumye. Bwe mumanya ebintu bino muba nʼomukisa bwe mubikola.
”Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde okumpi nʼekifuba kya Yesu,
”“Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”
”“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange,
”Buli anjagala anaagonderanga ebiragiro byange; era kubanga anjagala, ne Kitange anaamwagalanga. Era nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”
”Yesu nʼamuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye. Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma.
”“Mbaagadde nga Kitange bwʼanjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange. Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe. “Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire. Kye mbalagira kye kino nti Mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala. Tewali kwagala kusinga okwʼomuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira. Olwo nga sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya bifa ku mukama we. Kaakano mmwe muli mikwano gyange, kubanga mbategeezezza byonna Kitange bye yaŋŋamba.
”Kye mbalagira kye kino nti Mwagalanenga.
”Kitange abaagala nnyo kubanga nammwe munjagala nnyo era mukkiriza nti Nava eri Katonda.
”Nze nga ndi mu bo, era naawe ngʼoli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti Obaagala nga bwʼonjagala.”
”Era mbayigirizza ne bamanya erinnya lyo, era nzija kwongera okubamanyisa okwagala kwo kwʼonjagala, kulyoke kubeerenga mu bo, era nange mbeere mu bo.”
”Bwe baamala okulya, Yesu nʼagamba Peetero nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okusinga bano?” Peetero nʼaddamu nti, “Ddala, omanyi nga nkwagala nnyo.” Yesu nʼamugamba nti, “Kale liisanga abaana bʼendiga zange.” Yesu nʼamubuuza omulundi ogwokubiri nti, “Simooni omwana wa Yokaana, ddala onjagala?” Peetero nʼaddamu nti, “Ddala, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu nʼamugamba nti, “Kale lundanga endiga zange.” Yesu nʼabuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala?” Peetero nʼanakuwala kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” Peetero nʼamuddamu nti, “Mukama wange ggwe omanyi buli kimu, omanyi nga nkwagala.” Yesu nʼamugamba nti, “Kale liisanga endiga zange.
”Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna. Ebyʼobugagga byabwe nʼebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ngʼokwetaaga kwe bwe kwabanga. Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe nʼessanyu lingi nʼomutima ogutalina bukuusa,
”Mu bo temwali baali mu kwetaaga, kubanga abo abaalina ettaka oba amayumba, baabitundanga, ensimbi ezivudde mu bye batunze ne bazireeta ku bigere byʼabatume bagabireko buli muntu ngʼokwetaaga kwe bwe kwalinga.
”Awo bwe baali bakuba Suteefano amayinja, nʼakoowoola Katonda ngʼagamba nti, “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.” Nʼagwa wansi ku maviivi nʼakaaba mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mukama wange, tobavunaana olwʼekibi kino.” Bwe yamala okwogera ekyo, nʼafa.
”Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti: “Yatwalibwa ngʼendiga egenda okuttibwa. Ngʼomwana gwʼendiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya, naye bwʼatyo teyayasamya kamwa ke. Yajoogebwa nʼatalamulwa mu bwenkanya. Ani alyogera ku bazzukulu be? Kubanga ekiseera kye ekyʼobulamu bwe ku nsi kyakoma!”
”Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola nʼamaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate nʼokujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”
”Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe. Bwe twali tukyali banafu wakati mu bibi, Kristo yatufiirira ffe aboonoonyi. Kizibu okufiirira omuntu omutuukirivu. Oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufa ku lwʼomuntu omulungi. Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo nʼatufiirira. Kale obanga twaweebwa obutuukirivu olwʼomusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda. Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kwʼOmwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olwʼobulamu bwe?
”Ani alitwawukanya nʼokwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwerere, oba kabi, oba kitala? Kyawandiikibwa nti: “Ku lulwo tutiisibwatiisibwa nʼokuttibwa obudde okuziba, era tubalibwa ngʼendiga ezʼokusalibwa.” Naye mu bino byonna tuwangudde nʼokukirawo ku bwʼoyo eyatwagala.
”Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya nʼokwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
”Kubanga njogera olwʼekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo kyʼasaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera kyʼokukkiriza.
”Mube nʼokwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi, nga mwagalana mu kwagala okwʼabooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa, mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama, nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba. Mufengayo ku byetaago byʼabantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.
”Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga. Musanyukirenga wamu nʼabo abasanyuka, era mukaabirenga wamu nʼabo abakaaba. Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga. Temusasulanga kibi olwʼekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna. Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana nʼabantu bonna;
”abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bwʼayogera Mukama. “Noolwekyo omulabe wo bwʼalumwanga enjala, muliisenga; bwʼalumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bwʼokola bwʼotyo olimukumira amanda gʼomuliro ku mutwe gwe.” Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ngʼokola obulungi.
”Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ngʼatuukiriza amateeka. Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” nʼetteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” Ayagala muliraanwa we tamukola bubi; noolwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.
”Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango.
”Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso gʼentebe ya Katonda, eyʼokulamula. Kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bwʼayogera Mukama, ‘buli vviivi lirinfukaamirira era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ” Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.
”Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi. Mmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo. Kubanga obanga muganda wo anakuwala olwʼekyo kyʼolya, oba tokyatambulira mu kwagala; tolyanga kintu kyonna kyʼomanyi nga kinaakyamya omuntu oyo Kristo gwe yafiirira.
”Noolwekyo tunyiikirirenga ebyʼemirembe, nʼebyʼokuzimbagana ffekka ne ffekka.
”Ffe abanywevu kitugwanidde okwetikkanga obunafu bwʼabo abatali banywevu, so si okwesanyusa ffekka. Buli omu ku ffe asanyusenga muliraanwa we mu bulungi olwʼokumuzimba mu kukkiriza. Kubanga ne Kristo teyeesanyusa yekka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Ebivume byʼabo abaakuvuma byagwa ku nze.” Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube nʼessuubi. Kaakano Katonda wʼokugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu, mu mwoyo gumu nʼeddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo. Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olwʼekitiibwa kya Katonda.
”Mulamusagane nʼokunywegera okutukuvu. Ekkanisa zonna eza Kristo, zibalamusizza.
”Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, nʼebyʼesittaza ebikontana nʼokuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega. Kubanga abantu ngʼabo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi ebyʼokuwaanawaana nga balimbalimba emitima gyʼabanafu.
”Naye nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eriiso bye litalabangako, nʼokutu bye kutawulirangako, nʼomutima gwʼomuntu kye gutalowoozangako Katonda bye yategekera abo abamwagala.”
”Nʼokuwozaŋŋana mwekka na mwekka kiraga nti muli mu kabi. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?
”Kaakano ku bintu bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. Naye olwʼebikolwa ebyʼobwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we; era na buli mukazi abeerenga ne bba. Omusajja ateekwa okutuukirizanga ebyʼobufumbo byonna eri mukazi we era nʼomukazi bwʼatyo. Kubanga omukazi bwʼafumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era nʼomusajja bwʼatyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we yʼaba agulinako obuyinza. Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga eryʼokusabiramu nʼoluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olwʼobuteefuga bwammwe.
”Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olwʼokweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo.
”Omuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne.
”Temukolanga ekyo ekineesittaza Abayudaaya oba Abayonaani wadde abʼekkanisa ya Katonda. Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bwʼabalala balyoke balokolebwe.
”olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.
”Singa njogera ennimi zʼabantu nʼeza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ngʼekidde, ekireekaana oba ngʼekitaasa ekisaala. Ne bwe mba nʼekirabo ekyʼokwogera ebyʼobunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba nʼokukkiriza okungi ne kunsobozesa nʼokusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu. Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa. Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima. Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna. Okwagala tekulemererwa; obunnabbi buliggyibwawo, nʼennimi zirikoma, nʼebyʼamagezi birikoma.
”Kaakano waliwo ebintu bisatu ebyʼolubeerera: okukkiriza, nʼokusuubira, era nʼokwagala. Naye ekisingako ku ebyo obukulu kwe kwagala.
”Mugobererenga okwagala era muluubirirenga ebirabo ebyʼOmwoyo, na ddala ekirabo ekyʼokwogera ebyʼobunnabbi.
”Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.
”Kubanga okwagala kwa Katonda kutuwaliriza, ngʼomu bwe yafiirira bonna, bonna kyebaava bafa. Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bwʼoyo eyabafiirira era nʼazuukira,
”naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okwʼokubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa, ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba, ne mu bulongoofu, ne mu kumanya, ne mu bugumiikiriza, ne mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bukuusa, ne mu kigambo ekyʼamazima, ne mu maanyi ga Katonda olwʼebyokulwanyisa ebyʼobutuukirivu ebiri mu mukono ogwa ddyo nʼogwa kkono, wakati mu kitiibwa nʼokunyoomebwa, wakati mu kutufeebya, ne wakati mu kututenda, nga tuyitibwa abalimba ate nga tuli ba mazima. Ensi etusussa amaaso nga bʼetemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ngʼabaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa, nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ngʼabaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ngʼabatalina kintu naye ate nga tulina byonna.
”Mu kugezesebwa okwʼokubonaabona, baagattika essanyu lyabwe eryʼekitalo nʼobwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo. Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira. Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu. Ate era kye twali tutasuubidde, baasooka kwewaayo eri Mukama, nʼoluvannyuma gye tuli olwʼokwagala kwa Katonda.
”Naye nga bwe musukirira mu bintu byonna, mu kukkiriza, ne mu kigambo, ne mu kutegeera, ne mu kunyiikira kwonna, twagala okulaba nga ne mu kisa kino musukirira. Sibawa kiragiro, wabula olwʼokunyiikira kwʼabalala nʼokugezesa okwagala kwammwe nga kwʼamazima. Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.
”Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bwʼalina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo kyʼalina so si kyʼatalina.
”Noolwekyo okwagala kwammwe nʼokwenyumiriza kwammwe byeyoleke gye bali.
”Buli omu akola nga bwʼasazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olwʼokuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba nʼessanyu.
”Kaakano nze kennyini, Pawulo, mbeegayirira mu buwombeefu nʼobukkakkamu bwa Kristo bwe mba nabwo nga neetoowazizza nga ndi nammwe, naye bwe mba nga siri nammwe ne mba muvumu gye muli;
”Kyenva nsanyukira mu bunafu, mu kuvumibwa, mu bizibu, mu kuyigganyizibwa, mu binzitoowerera, ku lwa Kristo, kubanga buli bwe mba omunafu, olwo nga ndi wa maanyi.
”Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere nʼemirembe, Katonda owʼokwagala nʼemirembe anaabeeranga nammwe. Mulamusagane nʼokulamusa okutukuvu.
”Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nʼokwagala kwa Katonda, nʼokussekimu okwa Mwoyo Mutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.
”Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
”Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olwʼokwagala.
”Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olwʼokwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne. Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” Naye obanga muneneŋŋana mwegendereze muleme okwezikiriza.
”Ebikolwa byʼomubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, nʼebirala ebiri ngʼebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti Buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.
”Naye ebibala ebyʼOmwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, Obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.
”Abooluganda omuntu bwʼabanga alina ekibi kyʼakoze, mmwe abʼomwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo.
”Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bwʼali, yeerimbarimba. Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala.
”Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi. Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala abʼomu nnyumba eyʼokukkiriza.
”Yatulonda okubeera mu Kristo ngʼensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kyʼakunenyezebwa mu maaso ge, olwʼokwagala kwe.
”Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, nʼokwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira
”Kyokka olwʼokwagala kwe okungi, nʼekisa kye ekingi, ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa.
”Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.
”Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olwʼokukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga nʼemirandira mu kwagala nga mukunywereddemu, mulyoke mubeerenga nʼamaanyi awamu nʼabatukuvu bonna, okusobola okutegeera obugazi, nʼobuwanvu, nʼobugulumivu nʼokukka wansi ebiri mu kwagala kwa Kristo. Njagala mutegeere okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke musobole okutegeerera ddala Katonda bwʼali.
”Ngʼomusibe wa Mukama waffe, mbakuutira mubeere nʼempisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa okutambuliramu. Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala. Munyiikirenga okukuuma obumu obwʼOmwoyo mu kwegatta awamu okwʼemirembe.
”Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola ebyʼomugaso ngʼakola nʼemikono gye, alyoke afune kyʼagabirako nʼabo abeetaaga. Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira. Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa. Okunyiiga, nʼobusungu, nʼobukambwe, nʼokukaayana, nʼokuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe. Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.
”Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa. Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe nʼafuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.
”Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.
”Nammwe abasajja mwagalenga bakazi bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo.
”Nʼabasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. Tewali nʼomu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bwʼajjanjaba Ekkanisa ye, kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.
”“Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti Kyogera ku Kristo nʼEkkanisa ye. Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era nʼomukazi assengamu bba ekitiibwa.
”Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: Bwʼonoobanga obulungi, era nʼowangaala ku nsi. Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe. Abaddu, muwulirenga bakama bammwe abʼomu mubiri nga mubatya era nga mubawa ekitiibwa ngʼomutima gwammwe mumalirivu, nga bwe mwamalirira mu Kristo.
”Emirembe nʼokwagala awamu nʼokukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nʼabooluganda. Ekisa kya Katonda kibeerenga nʼabo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo nʼokwagala okutaggwaawo.
”Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala nʼokwagala okuva eri Kristo Yesu. Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi nʼokutegeera, mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo,
”Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okwʼokwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okwʼengeri yonna, oba okusaasira, mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, nʼomwoyo gumu, nga mulowooza bumu, nga temukola kintu na kimu olwʼokuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka, nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ngʼafaayo ne ku byʼabalala.
”Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu, ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda, Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda, wabula yeewaayo nʼafuuka ngʼomuddu, era nʼazaalibwa ngʼomuntu, era nʼalabikira mu kifaananyi kyʼomuntu, ne yeetoowaza, nʼaba muwulize nʼokutuukira ddala ku kufa, ate okufa okwʼokukomererwa ku musaalaba.
”Kale, baganda bange abaagalwa, era be nnumirirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era mmwe ngule yange; noolwekyo abaagalwa, muyimirire mu Mukama waffe.
”Buli bwe tubasabira, twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo. Twawulira okukkiriza kwe mulina mu Kristo Yesu, nʼokwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, abatukuvu,
”Kaakano nsanyuka olwʼokubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lwʼomubiri gwe, ye Kkanisa.
”Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo.
”Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, nʼekiruyi, nʼettima, nʼokuvvoola, nʼokunyumya emboozi eyʼensonyi. Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu owʼedda nʼebikolwa bye, ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi kyʼoyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera. Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa nʼataakomolebwa, Omunnaggwanga, nʼOmusukusi, omuddu nʼowʼeddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.
”Ngʼabalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, nʼekisa, nʼobuwombeefu, nʼobuteefu, nʼobugumiikiriza. Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna. Nʼemirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga. Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye ebyʼomwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
”Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe. Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe. Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo kyʼekisanyusa Katonda. Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.
”Abaddu, muwulirenga bakama bammwe abʼomu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga nʼomutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. Buli kyemukolanga mukikole ngʼabakolera Mukama waffe so si abantu,
”Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo nʼamagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina. Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ngʼenoga omunnyo, mulyoke mumanye ekyʼokwanukulanga buli muntu yenna.
”Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bwʼalikomawo nʼabatukuvu be bonna.
”Kaakano ku bikwata ku kwagalana kwʼabooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga. Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna abʼomu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga.
”Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola. Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira, mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olwʼomulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe. Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna. Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olwʼekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era nʼeri abantu bonna.
”Kitugwanidde okwebazanga Katonda bulijjo ku lwammwe abooluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kweyongedde nnyo okukula, awamu nʼokwagalana kwammwe mwekka na mwekka, ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olwʼokugumiikiriza kwammwe nʼokukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu nʼokubonaabona bye mugumiikiriza. Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera,
”Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe mu kutegeera okwagala kwa Katonda, nʼobugumiikiriza obuva eri Kristo.
”Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, nʼomwoyo omulungi, nʼokukkiriza okutaliimu bukuusa.
”Naye Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi nʼampa okukkiriza kungi, era nʼokwagala kwe tufunira mu Kristo Yesu.
”Waleme kubaawo muntu nʼomu akunyooma olwʼobuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza.
”Naye omuntu yenna bwʼatalabirira bantu be, na ddala abʼomu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
”Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo, ogobererenga obutuukirivu, nʼokutya Katonda, nʼokukkiriza, nʼokwagala, nʼokugumiikiriza, nʼobuwombeefu.
”Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana nʼekiro. Bwe nzijukira amaziga go ne neegomba okukulaba ndyoke nzijule essanyu.
”Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, nʼokwagala era nʼokwegendereza. Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olwʼEnjiri ngʼoyambibwa amaanyi ga Katonda,
”Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, nʼokuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza, era aluŋŋamya nʼobwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima,
”Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, nga ba nkwe, nga baagala ebyʼamasanyu okusinga bwe baagala Katonda; nga balina ekifaananyi ekyʼokutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu abʼengeri eyo obeewalanga.
”Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, nʼempisa zange, ne kye nduubirira, nʼokukkiriza kwange nʼokubonaabona kwange nʼokwagala kwange, nʼokugumiikiriza kwange,
”Naye ggwe yogeranga ebyo ebitayawukana na njigiriza entuufu. Kubirizanga abasajja abakulu babe bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abajjudde okukkiriza, okwagala nʼokugumiikiriza. Abakazi abakulu nabo bakubirize bwʼotyo babe nʼempisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi, balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga babbaabwe awamu nʼabaana baabwe. Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa. Nʼabavubuka bakubirizenga babe beegendereza, mu bintu byonna, ngʼobeera ekyokulabirako ekirungi mu byonna byʼokola, ngʼoli mwesimbu era assaayo omwoyo mu kuyigiriza kwo. Buli kyʼoyogera kiteekwa okuba nga tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo awakanya alyoke aswale, nga talina kibi kya kukwogerako.
”Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi nʼabʼobuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi. Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna. Kubanga naffe ffennyini twali basirusiru era abajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, nʼamasanyu aga buli ngeri, nga tuli ba ttima era abʼobuggya, nga tukyayibwa era nga tukyawagana. Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe nʼokwagala kwe bwe byalabika, nʼatulokola, si lwa bikolwa ebyʼomu butuukirivu bye twakola, wabula olwʼokusaasira kwe mu kunaazibwa okwʼokuzaalibwa okwʼomulundi ogwokubiri nʼokufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu,
”Bulijjo bwe mba nga nkusabira neebaza Katonda, kubanga buli kiseera mpulira nga bwʼolina okwagala nʼokukkiriza eri Mukama waffe Yesu nʼeri abatukuvu bonna.
”Nsanyuka nnyo era ne nziramu amaanyi olwʼokwagala kwo, kubanga emitima gyʼabatukuvu giziddwa buggya ku lulwo owooluganda. Noolwekyo newaakubadde era, nga nnina obuvumu mu Kristo, nga nandisobodde okukulagira okukola ekyo kyʼosaanira okukola, naye okwagala kwange gyʼoli kumpaliriza okukusaba obusabi, nze, Pawulo, kaakano akaddiye, era ali mu kkomera olwa Kristo Yesu;
”Kubanga Katonda mwenkanya tayinza kwerabira mulimu gwammwe omunene bwe gutyo, nʼokwagala kwe mwagala erinnya lye, era amanyi bwe mwaweereza abantu be, era bwe mukyeyongera okubaweereza.
”Era ndibasaasira, nʼebibi byabwe siribijjukira nate.”
”era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ngʼabamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lwʼokudda kwa Mukama waffe lusembedde.
”Kubanga Mukama gwʼayagala amukangavvula, Era abonereza buli gwʼayita omwana we.” Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ngʼabaana be. Mwana ki kitaawe gwʼatakangavvula? Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala. Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe abʼomubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe wʼemyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu?
”Mweyongere okwagalananga ngʼabooluganda. Temwerabiranga kusembeza bagenyi, kubanga waliwo abaasembeza bamalayika nga tebagenderedde. Mujjukirenga abasibe abali mu kkomera, nga muli nga abaasibirwa awamu nʼabo. Munakuwaliranga wamu nabo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe muli mu mubiri.
”Temwerabiranga kukola bulungi nʼokugabananga; kubanga ssaddaaka eziri ngʼezo Katonda zimusanyusa.
”Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa.
”Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga. Kubanga obusungu bwʼomuntu tebumuweesa butuukirivu bwa Katonda. Kale mulekenga emize gyonna, nʼekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize nʼobuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe.
”Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye nʼatafuga lulimi lwe, aba yeerimba, nʼeddiini ye teriiko kyʼegasa.
”Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ngʼayambadde engoye ezʼomuwendo omunene, ngʼanaanise nʼempeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo nʼomusajja omwavu ngʼali mu ngoye ezisensusesensuse, ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti Ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi wʼakatebe kwe nteeka ebigere byange,” kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi? Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi bʼeyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika abʼobwakabaka obwʼomu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala? Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga zʼamateeka?
”Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” Naye bwe musosola mu bantu muba mukoze kibi, nʼetteeka libasingisa omusango ngʼaboonoonyi.
”Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango.
”Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, naye omu ku mmwe nʼamugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? Noolwekyo nʼokukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.
”Nʼolulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya. Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala ebyʼomubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gwʼomuntu gwonna ne gwaka ngʼoluyiira okumutuusa mu kuzikirira.
”Ani alina amagezi nʼokutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ngʼakola ebikolwa ebyʼobwetoowaze ebyʼamagezi. Bwe muba nʼomutima omukyayi ogujjudde nʼobuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana nʼamazima.
”Kubanga buli awabeera obuggya nʼokwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era nʼebikolwa ebirala ebibi byonna. Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira nʼebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi. Era ekibala ekyʼobutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.
”Kiki ekireeta entalo nʼokulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala? Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba nʼobuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba. Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.
”Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti, “Katonda alwana nʼabʼamalala naye abawombeefu abawa ekisa.” Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi bʼebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, nʼessanyu lifuuke okunakuwala. Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza. Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme okwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bwʼosalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango.
”Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.
”Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi. Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi. Ekyokulabirako ekyʼokugumiikiriza nʼokubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama.
”Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba nʼomutima omumalirivu ogwʼomuntu omutuukirivu, kubeera nʼobuyinza bungi, era nʼebivaamu biba bya ttendo.
”Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olwʼokukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana nʼomutima ogutaliimu bukuusa.
”Kale mukomye buli ngeri yonna eyʼettima, nʼobulimba bwonna, nʼobukuusa, nʼobuggya, nʼokwogera ekibi kwonna. Ngʼabaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata agʼomwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe,
”Mussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga nnyo abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa abafuzi. Abaddu, mugonderenga bakama bammwe, nga mubassaamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi nʼabakwatampola naye nʼabo abakambwe.
”Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, nʼabalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera. “Kristo teyakola kibi wadde okwogera ebyobukuusa.” Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza.
”Ekyʼenkomerero, mwenna mubenga nʼemmeeme emu, buli omu alumirirwenga munne, era mwagalanenga ngʼabooluganda ddala, mubenga ba kisa era beetoowaze. Temuwooleranga ggwanga. Abavumye, mmwe temumuvumanga. Wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke muweebwe omukisa.
”Nʼekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi. Musembezeganenga awatali kwemulugunya. Buli omu asaanidde okukozesa nʼobwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olwʼokugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gyʼagaba.
”Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka nʼobuwombeefu kubanga “Katonda akyawa abʼamalala naye abawombeefu abawa omukisa.” Noolwekyo mwewombeeke wansi wʼomukono gwa Katonda ogwʼamaanyi, naye alibagulumiza ngʼobudde butuuse. Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.
”Mulamusagane nʼokwagala okwʼEkikristaayo. Emirembe gibeerenga mu mmwe mwenna abali mu Kristo.
”Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera, ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda, ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga.
”Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ngʼokwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye.
”Omuntu agamba nti atambulira mu musana, kyokka ate nʼakyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza. Naye ayagala owooluganda aba ali mu musana, era talinaawo kimwesittaza. Kyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mwʼatambulira, nga tategeera gyʼalaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.
”Temwagalanga nsi, wadde ebyʼensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe.
”Mulabe okwagala Katonda kwʼatwagala bwe kuli okunene ennyo, nʼatuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.
”Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga,
”Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa. Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye. Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olwʼabooluganda. Buli alina ebintu ebyʼomu nsi nʼalaba muganda we nga yeetaaga, naye nʼabulwako kyʼamuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye? Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.
”Era kino kyʼatulagira nti, tukkiririze mu linnya lyʼOmwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga ye bwe yatulagira.
”Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda. Naye buli atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala. Katonda yatulaga okwagala kwe, bwe yatuma mu nsi Omwana we omu yekka bwʼati, tulyoke tube abalamu ku bwʼoyo. Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti Ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, nʼawaayo Omwana we ngʼomutango olwʼebibi byaffe. Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bwʼatyo naffe tuteekwa okwagalananga. Tewali nʼomu eyali alabye ku Katonda, naye bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, nʼokwagala kwe ne kulabikira mu ffe.
”Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kwʼalina gye tuli. Katonda kwagala, era buli abeera nʼokwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. Bwe twagala bannaffe nga Kristo bwe yakola ngʼali mu nsi muno, tetulibaako kye tweraliikirira ku lunaku olwʼokusalirako omusango. Mu kwagala temuliimu kutya, kubanga okwagala okutuukiridde kumalawo okutya; kubanga okutya kulimu okubonerezebwa, na buli atya, aba tannatuukirira mu kwagala. Tulina okwagala kubanga Ye ye yasooka okutwagala. Omuntu yenna bwʼagamba nti, “Njagala Katonda,” naye nʼakyawa muganda we, omuntu oyo mulimba. Kubanga buli atayagala muganda we gwʼalabako, tasobola kwagala Katonda gwʼatalabangako. Era Katonda yennyini yatulagira nti, “Buli ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.”
”Buli akkiriza nti Yesu ye Kristo, oyo aba mwana wa Katonda, era buli ayagala kitaawe wʼomwana ayagala nʼomwana we. Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola byʼatulagira. Kubanga okwagala kwa Katonda kwe kukola ebyo byʼatulagira okukola. Okukola byʼatulagira si kizibu,
”Ekisa, nʼokusaasira nʼemirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe bijjanga kubeera naffe mu mazima ne mu kwagala.
”Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ngʼakuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.” Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.
”nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olwʼobulamu obutaggwaawo. Mubeerenga ba kisa eri abo ababuusabuusa mu kukkiriza, nʼabalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi zʼomuliro, nʼabalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ngʼaboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe.
”era nʼokuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era yʼafuga bakabaka abʼomu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe nʼomusaayi gwe,
”Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda.
”nti, Mmanyi ebikolwa byo, nʼokwagala kwo, nʼokukkiriza kwo, nʼobutuukirivu bwo, nʼokugumiikiriza kwo, era nʼebikolwa byo ebyʼoluvannyuma bisinga ebyasooka.
”Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya.
”Tebaliddayo kulumwa njala wadde ennyonta, newaakubadde omusana okubookya wadde ekyokya ekirala kyonna; kubanga Omwana gwʼEndiga ayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka, yʼanaabeeranga omusumba waabwe era yʼanaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ezʼamazzi agʼobulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
”Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ngʼomugole bwʼabeera ku mbaga eyʼobugole bwe, ngʼayonjereddwa bbaawe.
”Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.” Oyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka nʼagamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era nʼaŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!” Nʼaŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ezʼamazzi amalamu, agʼobuwa. Buli awangula alifuna ebyo byonna ngʼomugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange.
”