Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu waaliwo abakazi babiri, nnyabwe omu, abeewaayo mu Misiri, ne bakola obwamalaaya okuviira ddala mu buto bwabwe, era eyo gye baakwatirakwatira ku mabeere ne batandika nʼokumanya abasajja. Erinnya lyʼomukulu nga ye Okola, ne muto we nga ye Okoliba. Baali bange, era banzalira abaana aboobulenzi nʼaboobuwala. Okola ye yali ayitibwa Samaliya, Okoliba nga ye Yerusaalemi.” “Okola nʼakola obwamalaaya ngʼakyali wange, nʼakabawala ku baganzi be Abasuuli, abaserikale abaayambalanga kaniki, nʼabaamasaza, nʼabaduumizi bʼeggye, bonna nga basajja balabika bulungi era nga beebagala embalaasi. Yeewaayo okubeera malaaya eri abakulembeze abʼe Bwasuli, ne yeeyonoonyesa ne bakatonda abalala bonna aba buli muntu gwe yakabawalanga naye. Teyalekayo bwamalaaya bwe yatandikira mu Misiri.” “Kyenava muwaayo eri baganzi be Abasuuli, be yakabawalanga nabo. Baamwambula, ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta nʼekitala. Yafuuka ekivume mu bakazi ne bamuwa nʼekibonerezo.” “Newaakubadde nga muganda we Okoliba, yabiraba ebyo, yeeyongera mu bukaba bwe ne mu bwamalaaya bwe nʼokusinga muganda we. Yakabawala nʼAbasuuli, nʼabaamasaza nʼabaduumizi bʼeggye nʼabaserikale abaali bambadde obulungi engoye ennungi nʼabeebagalanga embalaasi nʼabaalabikanga obulungi abeegombebwanga. Ne ndaba nga naye yeeyonoonye, era bombi nga bakutte ekkubo lye limu.” “Naye wakati mu ebyo byonna, ne yeeyongeranga mu bwamalaaya bwe; nʼalaba ebifaananyi ebyʼabasajja ebyasiigibwa ku bisenge, nʼebifaananyi ebyʼAbakaludaaya ebyatonebwa mu langi emyufu, nga beesibye enkoba mu biwato, nga beesibye nʼebiremba ku mitwe, bonna nga bafaanana ngʼabakungu ba Babulooni abavuga amagaali abʼomu nsi eyʼAbakaludaaya. Awo olwatuuka, nʼabeegomba, nʼabatumira ababaka mu Bukaludaaya. Era Abababulooni ne bajja gyʼali, ne beebaka naye, era mu kwegomba kwe ne bamwonoona. Bwe baamusobyako nʼabaviira, nga yeetamiddwa. Bwe yagenda mu maaso nʼobwamalaaya bwe mu lwatu, nʼayolesa obwereere bwe, ne mmuviira nga nennyamidde, nga bwe nnava ku muganda we. Newaakubadde nga namukola ebyo byonna, yeeyongeranga bweyongezi mu maaso, nga bwe yejjukanya ennaku ezʼomu buvubuka bwe, bwe yakola obwamalaaya mu Misiri, gye yakabawalira ku baganzi be, abaalina entula ezʼekisajja nga zifaanana ezʼendogoyi, nʼamaanyi agabavaamu ngʼagʼembalaasi. Bwʼotyo nʼoyaayaanira okwegomba okwʼomu buvubuka bwo, bwe wali mu Misiri ne bakukwatirira mu ngeri eyʼobukaba, ne bakwatirira nʼamabeere go amato.”