24 – Amaka

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Amaka.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. Ogayigirizanga abaana bo nʼobwegendereza. Ogoogerengako bwʼonoobanga otudde mu maka go, ne bwʼonoobanga otambula mu kkubo, bwʼonoobanga ogalamiddeko, ne bwʼonoobanga ogolokose.

“Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti Kyogera ku Kristo nʼEkkanisa ye. Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era nʼomukazi assengamu bba ekitiibwa.

Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: Bwʼonoobanga obulungi, era nʼowangaala ku nsi. Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 302 ebitundu

Bwʼatyo Katonda nʼatonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera; nʼabatonda omusajja nʼomukazi. Katonda nʼabawa omukisa, nʼabagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”

Mukama Katonda nʼayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.” Naye olwo Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ezʼomu nsiko nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga. Nʼabireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo. Bwʼatyo omuntu nʼatuuma buli nsolo eyʼawaka, nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga nʼensolo ezʼomu nsiko amannya. Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi.

Mukama Katonda nʼaleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase nʼamuggyamu olubirizi lumu, nʼazzaawo ennyama. Mukama Katonda nʼatonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja nʼamumuleetera. Omusajja nʼagamba nti, “Lino lye ggumba eryʼomu magumba gange, ye nnyama eyʼomu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.”

Noolwekyo omusajja kyʼanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu. Omusajja nʼomukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.

Omusajja nʼaddamu nti, “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange yʼampadde ekibala ne ndya.” Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino kyʼokoze?” Omukazi nʼaddamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.”

Nteeka obulabe wakati wo nʼomukazi, ne wakati wʼezzadde lyo nʼezzadde lyʼomukazi; ezzadde lye linaakubetentanga omutwe, naawe onoolibojjanga ekisinziiro. Nʼagamba omukazi nti, “Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ngʼoli lubuto, onoozaaliranga mu bulumi; musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga kyokka anaakufuganga.” Nʼagamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, nʼolya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako; ensi ekolimiddwa ku lulwo: mu ntuuyo zo mwʼonoofuniranga ekyokulya ennaku zonna ezʼobulamu bwo.

Omusajja nʼatuuma omukazi erinnya Kaawa, oyo ye nnyina wʼabalamu bonna.

Adamu nʼamanya Kaawa, mukazi we, nʼaba olubuto nʼazaala Kayini nʼagamba nti, “Mukama annyambye nzadde omuntu.” Oluvannyuma nʼazaala muganda we Aberi. Aberi nʼaba mulunzi, ye Kayini nʼabeera mulimi. Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini nʼalyoka aleeta ebibala byʼebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Katonda. Aberi naye nʼaleeta ku baana bʼendiga ze ababereberye nʼamasavu gaazo. Mukama nʼasiima Aberi nʼekiweebwayo kye. Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini nʼasunguwala nnyo, ne ndabika yʼamaaso ge nʼewaanyisibwa. Mukama nʼabuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era nʼendabika yʼamaaso go lwaki ewaanyisiddwa? Bwʼonookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bwʼotokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.” Kayini nʼagamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini nʼagolokokera ku muganda we Aberi, nʼamutta. Awo Mukama nʼabuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?” Nʼamuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?” Mukama nʼamugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi lyʼomusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira. Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse.

Luno lwe lulyo lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda. Yabatonda omusajja nʼomukazi, nʼabawa omukisa nʼabatuuma, “abantu.”

Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, nʼazaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, nʼamutuuma Seezi. Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu nʼamala emyaka lunaana, nʼazaaliramu abaana aboobulenzi nʼaboobuwala. Emyaka gyonna Adamu gye yamala gyali lwenda mu asatu, nʼafa.

Abantu bwe beeyongera obungi ku nsi ne bazaalirwa abaana aboobuwala.

Awo Mukama nʼagamba Nuuwa nti, “Yingira mu lyato, ggwe nʼabantu bo bonna, kubanga nkulabye ngʼoli mutuukirivu mu mulembe guno.

Awo Katonda nʼawa Nuuwa ne batabani be omukisa nʼagamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi.

Awo Mukama nʼagamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga. Nange ndikufuula eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, nʼerinnya lyo ne ndifuula kkulu, olyoke obeere mukisa. Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa, era buli alikukolimira nange namukolimiranga; era mu ggwe amawanga gonna agʼomu nsi mwe galiweerwa omukisa.”

“Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe wʼamawanga mangi. Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe wʼamawanga mangi. Ndikwaza nnyo nnyini; era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe. Era ndituukiriza endagaano yange naawe, nʼezzadde lyo mbeere Katonda wo era Katonda wʼezzadde lyo eririddawo. Endagaano eno teriggwaawo emirembe nʼemirembe.

Katonda nʼagamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala. Ndimuwa omukisa, era ndikuwa omwana owoobulenzi mu ye. Ndimuwa omukisa, alibeera jjajja wʼamawanga, bakabaka baamawanga baliva mu ye.” Awo Ibulayimu nʼavuunama nʼaseka, nʼagamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala owʼemyaka ekyenda alizaala omwana?”

Mmulonze alagire abaana be nʼabantu be abaliddawo okukwatanga ekkubo lya Mukama nga bakola ebyʼobutuukirivu era nga ba mazima, Mukama alyoke atuukirize ekyo kye yasuubiza Ibulayimu.”

Awo Mukama nʼakwatirwa Saala ekisa nga bwe yagamba Ibulayimu nʼakola Saala nga bwe yasuubiza. Saala nʼaba olubuto, nʼazaalira Ibulayimu omwana owoobulenzi mu bukadde bwe, mu kiseera Mukama kye yamugamba. Ibulayimu nʼatuuma omwana owoobulenzi, eyamuzaalirwa Saala, erinnya Isaaka.

Awo Isaaka nʼatwala Lebbeeka nʼamuyingiza mu weema eyali eya Saala nnyina, nʼafuuka mukazi we nʼamwagala. Isaaka nʼalyoka afuna essanyu kasookedde afiirwa nnyina.

Era ezzadde lyo liriba ngʼenfuufu yʼoku nsi, era olibuna obugwanjuba nʼobuvanjuba era nʼobukiikakkono nʼobukiikaddyo. Mu ggwe ne mu zadde lyo amawanga gonna agʼoku nsi mwe galiweerwa omukisa.

Yakobo yayagala Laakeeri, era nʼagamba Labbaani nti, “Nzija kukuweereza emyaka musanvu olwa muwala wo omuto Laakeeri.” Labbaani kwe kumuddamu nti, “Kituufu okumuwa ggwe ne ssimuwa musajja mulala yenna. Beera nange.” Bwʼatyo Yakobo nʼakolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ngʼennaku obunaku gyʼali kubanga yamwagala nnyo.

Laakeeri bwe yalaba nga tazaalidde Yakobo baana, nʼakwatirwa muganda we obuggya; nʼagamba Yakobo nti, “Mpa abaana oba si ekyo nzija kufa!” Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, nʼamugamba nti, “Nze Katonda akummye okuzaala?”

Awo Mukama nʼagamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, mu bantu bo, era nnaabeeranga naawe.”

Awo Yakobo nʼagamba abʼomu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe,

Awo Yusufu nʼatasobola kwefuga nʼalemererwa okwongera okwekuuma mu maaso gaabo bonna abaaliwo; kwe kulagira nti, “Muggyeewo abantu bonna mu maaso gange.” Bwe kityo ne wataba muntu mulala yenna Yusufu bwe yali yeeraga eri baganda be. Awo nʼakaaba mu ddoboozi eryʼomwanguka, nʼAbamisiri ne bamuwulira era nʼennyumba yonna eya Falaawo nabo ne bamuwulira. Yusufu nʼagamba baganda be nti, “Nze Yusufu, kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batayinza kumuddamu, kubanga okweraliikirira kwabayinga mu maaso ge.

Awo Yusufu nʼateekateeka eggaali lye nʼagenda okusisinkana Isirayiri kitaawe e Goseni, nʼamweraga, nʼamugwa mu kifuba nʼakaabira mu kifuba kye okumala akabanga.

Awo Yusufu nʼasenza kitaawe ne baganda be e Misiri, nʼabawa ekitundu ekyali kisinga obulungi ekyʼe Goseni, mu Disitulikiti eyʼe Lamusesi nga Falaawo bwe yalagira. Yusufu nʼawa kitaawe ne baganda be nʼabʼennyumba ya kitaawe emmere ngʼomuwendo gwʼabaana baabwe bwe gwali.

Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olwʼebibi bya bakitaabwe nʼebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna ogwʼabo abankyawa.

“Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama gyʼakuwadde.”

“Akubanga kitaawe oba nnyina, ateekwa buteekwa okuttibwa.”

“Nnamwandu ne mulekwa temubajooganga.

Akuuma okwagala eri enkumi nʼenkumi asonyiwa ebisobyo byabwe, nʼobujeemu bwabwe, nʼebibi byabwe. Talema kubonereza oyo asingiddwa omusango. Abonereza abaana nʼabazzukulu olwʼebisobyo bya bakadde baabwe nʼebya bajjajjaabwe, okutuukira ddala ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna.”

Era bwe muliwasiza batabani bammwe abamu ku bawala baabwe, abawala abo ne bagoberera bakatonda baabwe, balireetera batabani bammwe nabo okukola bwe batyo.

“Buli omu mu mmwe assengamu nnyina ne kitaawe ekitiibwa; era mukuumenga Ssabbiiti zange. Nze Mukama Katonda wammwe.

“Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ngʼasobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye.

Omuntu yenna anaakolimiranga kitaawe oba nnyina wa kuttibwanga. Noolwekyo akolimidde kitaawe oba nnyina, omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe.

Tebawasanga mukazi malaaya oba atali mulongoofu, oba oyo agobeddwa ewa bba; kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe.

Anaawasanga omukazi mbeerera atamanyanga musajja. Tawasanga nnamwandu, oba omukazi bba gwe yagoba, oba omukazi eyeereeseeko obutali bulongoofu olwʼokukuba obwamalaaya; naye anaawasanga omukazi embeerera ngʼamuggya mu bantu be;

“ ‘Eryo lye tteeka eryʼobuggya, omukazi bwʼanaakyamanga ne yeeyonoona songa mufumbo aliko bba, oba omusajja bwʼanaayingirangamu omwoyo ogwʼebbuba, nʼakwatirwa mukazi we obuggya; kale anaaleetanga mukazi we oyo eri Mukama Katonda, kabona nʼalyoka assa etteeka eryo mu nkola ku mukazi oyo. Balo taabengako kyonoono ku nsonga ezo wabula mukazi we yʼanaabangako omusango olwʼokwonoona kwe.’ ”

“Abawala ba Zerofekadi kye bagamba kituufu; bafunire omugabo ogwʼobutaka awamu ne baganda ba kitaabwe, era nʼomugabo gwa kitaabwe gubaweebwe. “Era gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Omusajja bwʼanaafanga nga taleseewo mwana wabulenzi, kale omugabo gwe ogwʼobusika bwe gunaaweebwanga omwana we omuwala. Bwʼataabenga na mwana wabuwala, omugabo gwe onooguwanga baganda be. Bwʼanaabanga talina baganda be, omugabo gwe onooguwanga baganda ba kitaawe. Kitaawe bwʼaba nga teyalina baganda be, omugabo gwe onooguwanga owooluganda asinga okuba owʼokumpi mu kika kye, oyo yʼanaagutwalanga. Eryo linaabanga tteeka erinaakwatibwanga abaana ba Isirayiri, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.’ ”

Kino kye kiragiro kya Mukama Katonda ku nsonga zʼabawala ba Zerofekadi: Mubaleke bafumbirwenga omusajja gwe baneesiimiranga, naye omusajja oyo gwe banaafumbirwanga anaavanga mu kika kya kitaabwe. Mu byʼobusika bwʼabaana ba Isirayiri, tewaabengawo butaka obwʼobusika obunaggyibwanga mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala, kubanga buli omu mu baana ba Isirayiri anaakuumanga butiribiri obutaka obwʼomu kika kye bwʼanaabanga asikidde okuva ku bajjajjaabe. Era buli mwana owoobuwala anaasikiranga obutaka mu kika kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri, anaateekwanga okufumbirwa omusajja owʼomu kika kya kitaawe wʼomuwala oyo; bwe kityo buli mwana wa Isirayiri anaabeeranga nʼobutaka obwʼobusika bwa bakitaawe. Noolwekyo tewaabengawo butaka obwʼobusika obuggyibwa mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala; kubanga buli kika ekyʼabaana ba Isirayiri kinaakuumanga butiribiri obutaka bwʼobusika obwʼekika ekyo.”

“Ekikulu, weekuume nnyo nga weerabirira mu ngeri gye weeyisaamu, olemenga kwerabira ebyo byonna amaaso go bye gazze galaba oleme okubiganya okuva mu mutima gwo ennaku zonna ezʼobulamu bwo. Biyigirizenga abaana bo, nabo babiyigirizenga abaana baabwe. Kirungi mujjukire nga bwe mwayimirira awali Mukama Katonda wammwe, ku lusozi Kolebu, bwe yaŋŋamba nti, ‘Kuŋŋaanya abantu bonna obandeetere wano we ndi, bawulire ebigambo byange, balyoke bayige okumpulira nga bantya; banzisengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala ku nsi, era ebigambo ebyo babiyigirizenga abaana baabwe.

“Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaalenga, era obeerenga nʼemirembe, mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa.”

Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. Ogayigirizanga abaana bo nʼobwegendereza. Ogoogerengako bwʼonoobanga otudde mu maka go, ne bwʼonoobanga otambula mu kkubo, bwʼonoobanga ogalamiddeko, ne bwʼonoobanga ogolokose.

Tofumbiriganwanga nabo. Towangayo muwala wo kufumbirwanga mutabani we, oba mutabani we okuwasanga muwala wo. Kubanga bagenda kukyamya mutabani wo alekerengaawo okugoberera Mukama, baweerezenga bakatonda abalala; era obusungu bwa Mukama bunaababuubuukirangako nʼakuzikiriza mangu.

Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ngʼabawa emmere nʼebyokwambala.

Mubiyigirizenga abaana bammwe, ngʼobinyumyako bwʼonoobanga otudde mu nnyumba yo, ne bwʼonoobanga otambula mu nguudo; ne bwʼonoogalamirangako, era ne bwʼonoositukanga.

Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, nʼabaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda wo.

Onoojaguzanga ngʼoli ku Mbaga eyo, ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, nʼomuweereza wo omusajja, nʼomuweereza wo omukazi, nʼOmuleevi, nʼomunnaggwanga, ne mulekwa, ne nnamwandu, abanaabeeranga mu bibuga byo.

Tawasanga bakazi bangi kubanga bagenda kumukyamyanga. So tekimugwanira kwetuumangako zaabu nʼeffeeza ennyingi ennyo.

Waliwo mu mmwe eyali ayogereza omukazi, naye nga tannamuwasa? Kimugwanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ngʼafiira mu lutalo, omuntu omulala nʼawasa omukazi oyo.”

Omusajja bwʼanaabanga nʼabakazi babiri, omu nga muganzi naye omulala nga mukyawe, bombi ne bamuzaalira abaana aboobulenzi, naye ngʼomwana omubereberye ye wʼomukyawe; bwʼanaabanga agabira batabani be abo ebintu bye mu ddaame lye, takkirizibwenga kuyisa mwana wa muganzi ngʼomubereberye, singa omwana wʼomukyawe ye mubereberye. Anaasaaniranga okukkiriza nti Omwana wʼomukyawe ye mubereberye, era anaamuwanga emiteeko ebiri egyʼebintu bye byonna byʼalina, kubanga oyo ge maanyi ga kitaawe amabereberye. Ye nannyini ddembe eryʼobwebange eryʼomwana omubereberye.

Omuntu bwʼanaabanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu atagondera biragiro bya kitaawe wadde ebya nnyina, atabafaako bwe bamubonerezaamu olwʼobutawulira, kitaawe ne nnyina banaamukwatanga ne bamuleeta eri abakulu abakulembeze abʼomu kibuga kye waabwe nga bali wabweru wʼomulyango gwʼekibuga ekyo. Banaategeezanga abakulu abakulembeze bʼomu kibuga kye waabwe nti, “Mutabani waffe ono mukakanyavu era mujeemu. Tatuwulira. Wa mulugube nnyo era mutamiivu.” Kale nno abasajja bʼomu kibuga ekyo banaamukubanga amayinja ne bamutta. Bwʼotyo bwʼonoomalangawo ekibi wakati wo. Isirayiri yenna anaakiwuliranga, nʼatya.

Omusajja bwʼaneewasizanga omukazi, kyokka oluvannyuma lwʼokusula naye, nʼamukyawa, nʼamuwaayiriza ngʼamukonjera ngʼagamba nti, “Nawasa omukazi ono, naye bwe nasula naye saamusanga nga mbeerera,” Kitaawe wʼomuwala oyo ne nnyina banaaleeteranga abakulembeze abakulu abʼekibuga ekyo, nga bali ku wankaaki waakyo, obujulizi obunaalaganga ngʼomuwala waabwe yali mbeerera. Kitaawe wʼomuwala anaategeezanga abakulembeze abakulu nti, “Nagabira omusajja ono omwana wange omuwala amuwase, naye omusajja amukyaye. Kaakano wuuno amuwaayiriza ngʼamukonjera ngʼamwogerako nti, Muwala wo namusanga nga si mbeerera.” Naye obujulizi buubuno obulaga ngʼomwana wange ono omuwala yali mbeerera. Abazadde bʼomuwala banaayanjululizanga essuuka yʼobuliri mu maaso gʼabakulembeze abakulu abʼekibuga ekyo. Abakulembeze abakulu bʼekibuga ekyo banaatwalanga bba wʼomuwala, banaasookanga okumukubamu. Ate ne bamusalira omutango gwa sekeri za ffeeza kikumi; banaaziwanga kitaawe wʼomuwala; kubanga omusajja oyo anaabanga aleese erinnya ebbi ku muwala wa Isirayiri embeerera. Omuwala oyo anaabeeranga mu maka gʼomusajja oyo ebbanga lyonna, era omusajja takkirizibwenga kugoba mukazi we oyo ebiro byonna omusajja oyo byʼalimala nga mulamu. Naye singa omusajja nga byʼanaabanga ayogedde bya mazima, nga nʼobujulizi obukakasa ngʼomuwala yali mbeerera bunaabanga bubuze, kale nno omuwala oyo anaaleetebwanga ku muzigo gwʼennyumba ya kitaawe, era abasajja abʼomu kibuga kyʼomuwala oyo banaamukubiranga awo amayinja nʼafa. Kubanga anaabanga akoze ekikolwa kya bugwenyufu nnyo ekyʼokumanya abasajja ngʼakyali mu luggya lwa kitaawe. Ekibi musaananga mukimalemu mu Isirayiri. Omusajja bwʼanaakwatibwanga nga yeebase nʼomukyala wʼomusajja omulala, kale, omusajja akwatiddwa nʼomukyala gwʼanaabanga yeebase naye, bombi baakuttibwanga. Ekibi musaana mukimalengamu mu Isirayiri.

“Abantu bonna abanaazaalibwanga mu bufumbo obutaabenga butukuvu tebaayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda. Bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogwʼekkumi, nabo tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.

Omusajja bwʼanaawasanga omukazi, naye oluvannyuma nʼamukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bwʼatyo nʼamuwandiikira ebbaluwa eyʼokumugoba, nʼagimukwasa, nʼamugoba mu nnyumba ye, omukazi oyo anaayinzanga okwefunira omusajja omulala nʼamufumbirwa. Omusajja ono owookubiri naye bwʼanaamukyawanga nʼamuwandiikira ebbaluwa eyʼokumugoba, nʼagimukwasa, nʼamugoba mu nnyumba ye, oba omusajja oyo owookubiri bwʼanaafanga; bba eyasooka, eyali amugobye takkirizibwenga kuddamu kumuwasa kuba mukazi we, kubanga omukazi oyo anaabanga amaze okwebaka nʼomusajja omulala. Ekyo kinaabanga kya kivve mu maaso ga Mukama. Totwalanga kibi mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa okubeera obutaka bwo obwʼenkalakkalira.

Omusajja bwʼanaabanga yaakawasa taalondebwenga kugenda kutabaala oba okuweebwa omulimu omulala omunene ngʼogwo. Anaasigalanga mu maka ge okumala ebbanga lya mwaka mulamba ngʼasanyusa mukazi we gwʼanaabanga awasizza.

“Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

“Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

Ebintu ebyʼekyama bya Mukama Katonda waffe, naye ebyo ebyabikkulibwa bye byaffe nʼabaana baffe emirembe gyonna, tulyoke tugonderenga ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.

Okuŋŋaanyanga abantu: abasajja, nʼabakazi, nʼabaana, ne bannamawanga abanaaberanga mu bibuga byo, balyoke bawulirizenga era bayigenga okutya Mukama Katonda wammwe, era bagobererenga nʼobwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano. Bwe batyo abaana baabwe abataamanyanga mateeka gano, balyoke bagawulire bayigenga okutyanga Mukama Katonda wammwe, obulamu bwammwe bwonna bwe mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugirya.”

Nʼabagamba nti, “Nga nange bwe mbakoledde ebyekisa, mbasaba nammwe munkolere bwe mutyo nga mulayira mu linnya lya Mukama era mumpe nʼobukakafu nga mulitutaliza; nze, ne kitange, ne mmange, ne baganda bange, ne bannyinaze awamu nʼabo bonna be babeera nabo.”

“ ‘Enkya mujjire mu bika byammwe, buli kika Mukama kyʼanaalondamu kinaasembera luggya ku luggya, nʼoluggya Mukama lwʼanaalondamu lunajja nju ku nju, era enju Mukama gyʼanaalondamu enejja muntu ku muntu.

kubanga bwe munaamuvaangako ne mwegattanga nʼabamawanga abaasigalawo abali mu mmwe, oba ne mufumbiriganwa ne mukolagananga nabo, mukitegeererewo nti Mukama Katonda wammwe tagenda kweyongera kubagobamu mawanga gano, naye ganaafuukanga emitego era enkonge gye muli, embooko ezinaabakubanga mu mbiriizi, nʼamaggwa aganaabafumitanga mu maaso gammwe okutuusa lwe mulizikirira mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gyʼabawadde.

Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala wʼomugga be baaweerezanga, oba bakatonda abʼAbamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze nʼennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda.”

Mu kiseera ekyo nʼabaana ba Isirayiri buli muntu mu kika kye ne yeddirayo mu busika bwe.

Naye Luusi nʼamwegayirira ngʼagamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gyʼonoogendanga, nange gye nnaagendanga, gyʼonooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo yʼanaaberanga Katonda wange.

Era ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maloni, naye mututte okuba mukazi wange, okusobola okukuuma erinnya lyʼomugenzi Erimereki nʼebintu bye, erinnya lye lireme okufiira awo ate nʼokugibwa ne ligibwa mu bitabo bye byafaayo ebyʼekibuga. Mmwe bajulirwa!”

Bba Erukaana nʼamubuuza nti, “Kaana, okaabiranga ki? Lwaki tolya? Kiki ekikweraliikiriza? Nze sikusingira abaana ekkumi?”

Ne yeeyama ngʼagamba nti, “Ayi Mukama Ayinzabyonna, bwʼolitunuulira ennaku eyʼomuweereza wo, nʼonzijukira, nʼompa omwana owoobulenzi, ndimuwaayo eri Mukama Katonda ennaku zonna ezʼobulamu bwe nga muwonge, era enviiri ze teziimwebwengako.”

Namusaba omwana ono, era Mukama Katonda ampadde kye namusaba. Kaakano mmuwaayo eri Mukama, era obulamu bwe bwonna aweereddwayo eri Mukama Katonda.” Omwana nʼasinzizanga Mukama Katonda eyo.

Batabani ba Eri baali basajja ba mpisa mbi, nga tebatya Mukama Katonda,

Samwiri nʼaweerezanga mu maaso ga Mukama Katonda nga mulenzi muto, eyayambalanga ekkanzu eyʼobwakabona eya bafuta.

Awo omuvubuka Samwiri ne yeeyongera okukula, nʼaba muganzi eri Mukama nʼeri abantu.

Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bwʼanasobyanga nnaamukangavvulanga nʼomuggo ogwʼabantu nʼenga ezʼabantu.

Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bannaggwanga bangi: Abamowaabu, nʼAbamoni, nʼAbayedomu, nʼAbasidoni, nʼAbakiiti, ngʼokwo kwʼogasse muwala wa Falaawo, nga bava mu mawanga Mukama ge yayogerako ngʼalabula Abayisirayiri nti, “Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.” Naye omutima gwa Sulemaani ne guwugulwa, era naabagala. Sulemaani yalina abakyala lusanvu abambejja, nʼabakazi abalala ebikumi bisatu, era abo bonna ne bamuwabya. Mu bisera bya Sulemaani ebyʼobukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala.

Noolwekyo temuwaayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe newaakubadde batabani bammwe okuwasa bawala baabwe. Temwongeranga ku bulungi bwabwe newaakubadde obugagga bwabwe, mulyoke mube nʼamaanyi mulye ebirungi byʼensi, ate era mubirekere nʼabaana bammwe okuba omugabo ogwʼemirembe nʼemirembe.’ ”

Awo Ezera kabona nʼayimirira nʼabagamba nti, “Mwayonoona bwe mwawasa abakazi bannamawanga ne mwongera ku musango gwa Isirayiri. Kaakano mwatule ebibi byammwe eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe, mukole ebyo byʼasiima. Mweyawule ku mawanga agabeetoolodde era muleke nʼabakazi bannamawanga.” Awo ekibiina kyonna ne kiddamu nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, “Oli mutuufu, tuteekwa okukola nga bwʼogambye.

Kyokka mukyala we nʼamugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!” Naye ye nʼamuddamu nti, “Oyogera ngʼomu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?” Mu bino byonna Yobu teyayonoona na kamwa ke.

Abawere nʼabayonka wabawa amaanyi okukutendereza; ne basirisa omulabe wo nʼoyo ayagala okwesasuza.

Olwanirira abataliiko bakitaabwe nʼabajoogebwa; omuntu obuntu owʼoku nsi nʼataddayo kubatiisa.

Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange, era wampa okukwesiga ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka. Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo; olwava mu lubuto lwa mmange nʼobeera Katonda wange.

Kitange ne mmange bwe balindeka, Mukama anandabiriranga.

Nnali muto kati nkaddiye, naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo, wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya. Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe nʼessanyu. Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.

Ddala, nazaalibwa mu kibi; kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi. Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange. Ompe amagezi munda ddala mu nze.

Ye Kitaawe wʼabataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu; ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu. Katonda afunira abatalina we babeera ekifo ekyʼokubeeramu, aggya abasibe mu kkomera nʼabagaggawaza; naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

Ndyogerera mu ngero, njogere ebintu ebyʼekyama ebyaliwo edda, Ebintu bye twawulira ne tumanya; ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza. Tetuubikisenga baana baabwe, naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo ebikolwa bya Mukama ebyʼekitalo, nʼamaanyi ge nʼebyamagero bye yakola. Yawa Yakobo ebiragiro, nʼateeka amateeka mu Isirayiri; nʼalagira bajjajjaffe babiyigirizenga abaana baabwe, Abʼomu mulembe oguliddirira nabo babimanye, nʼabaana abalizaalibwa, nabo babiyigirize abaana baabwe, balyoke beesigenga Katonda, era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola; naye bagonderenga ebiragiro bye. Baleme okuba nga bajjajjaabwe, omulembe ogwʼabakakanyavu era abajeemu abatali bawulize, abʼemyoyo egitali myesigwa eri Katonda.

Abanafu nʼabatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu nʼabanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.

Kitaawe wʼabaana nga bwʼasaasira abaana be, ne Mukama bwʼatyo bwʼasaasira abo abamutya.

Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo emirembe gyonna, nʼobulokozi bwe eri abaana bʼabaana baabwe.

Mmwe bazzukulu bʼomuddu we Ibulayimu, mmwe batabani bʼomulonde we Yakobo; Ye Mukama Katonda waffe; ye alamula mu nsi yonna. Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna, kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,

Omukazi omugumba amuwa abaana, nʼabeera mu maka ge nʼezzadde lye ngʼajjudde essanyu. Mutendereze Mukama!

Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi, mmwe nʼabaana bammwe.

Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama; era abaana mpeera gyʼagaba okuva gyʼali. Ngʼobusaale bwe bubeera mu mukono gwʼomulwanyi, nʼabaana abazaalibwa mu buvubuka bwʼomuntu bwe bali bwe batyo. Alina omukisa omuntu oyo ajjuzza ensawo ye nʼobusaale, kubanga tebaliswazibwa; balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

Mu nnyumba yo, mukyala wo aliba ngʼomuzabbibu ogubala ennyo; abaana bo aboobulenzi baliba ngʼamatabi gʼemizeeyituuni nga beetoolodde emmeeza yo.

Owangaale olabe abaana bʼabaana bo! Emirembe gibeere mu Isirayiri.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa, abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.

Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze; ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange. Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri eyʼentiisa era eyʼekitalo; emirimu gyo gya kyewuunyo; era ekyo nkimanyidde ddala bulungi. Wammanya nga ntondebwa, bwe nakolerwa mu kyama; bwe natondebwa mu buziba bwʼensi nʼamagezi go amangi. Wandaba nga si natondebwa. Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera zawandiikibwa mu kitabo kyo.

Abavubuka abalenzi nʼabawala; abantu abakulu nʼabaana abato. Bitendereze erinnya lya Mukama, kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa; ekitiibwa kye kisinga byonna ebyʼomu nsi nʼebyʼomu ggulu.

Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo, era tolekanga kukuutira kwa maama wo;

Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, nʼokunenya kwe kulemenga okukukooya, kubanga Mukama anenya oyo gwʼayagala, nga kitaawe wʼomwana bwʼanenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.

Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ngʼokwa kitammwe, era musseeyo omwoyo mufune okutegeera. Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi; temulekanga biragiro byange. Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange, omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange, Yanjigiriza nʼaŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo, kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.

Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange olyoke owangaalire ku nsi nʼessanyu eringi. Nkuluŋŋamya mu kkubo eryʼamagezi, ne nkukulembera mu makubo agʼobutuukirivu.

Mutabani wange wuliriza nʼobwegendereza ebigambo byange; osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza; Ebigambo bino tebikuvangako, bikuumire ddala mu mutima gwo, kubanga bya bulamu eri abo ababifuna, era biwonya omubiri gwabwe gwonna. Ekisinga byonna kuuma omutima gwo, kubanga yʼensulo yʼobulamu bwo.

Kale leka ensulo yo ebeere nʼomukisa, era osanyuke ne mukazi wo owʼomu buvubuka bwo. Ngʼennangaazi eyeeyagaza nʼempeewo esanyusa, leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.

Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo, era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.

Omwana owʼamagezi asanyusa kitaawe; naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.

Omuntu aleeta emitawaana mu maka gʼewaabwe, alisikira mpewo; era nʼomusirusiru aliba muddu wʼoyo alina omutima ogwʼamagezi.

Omukyala owʼempisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we, naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.

Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe, naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.

Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika, naye obugagga bwʼomwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.

Atakozesa kaggo akyawa omwana we, naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.

Omukazi owʼamagezi yeezimbira ennyumba ye, naye omusirusiru eyiye agyemenyera nʼemikono gye.

Omusirusiru anyooma okubuulirirwa kwa kitaawe, naye omutegeevu assaayo omwoyo eri okunenyezebwa.

Omwana omugezi asanyusa kitaawe, naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.

Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi, era alifuna ebyobusika ngʼomu ku baana bʼawaka.

Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe, era nʼabaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.

Omukwano ogwʼamagezi guba gwa lubeerera, era owooluganda yeesigibwa mu biro ebyʼennaku.

Omwana omusirusiru buyinike eri kitaawe, era aleeta ennaku eri nnyina eyamuzaala.

Azuula omukazi omulungi owʼokuwasa aba azudde ekirungi, era aganja eri Mukama.

Omwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira, nʼomukazi omuyombi ali ngʼenkuba etonnya olutata. Ennyumba nʼobugagga bisikirwa okuva ku bazadde, naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.

Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi, oleme kumuwaayo mu kuzikirira.

Omwana abba ebya kitaawe nʼagobaganya ne nnyina, aleeta obuswavu nʼobuyinike.

Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa; ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.

Omuvubuka naye amanyibwa olwʼebikolwa bye, obanga birongoofu era nga birungi.

Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina, ettabaaza ye erizikizibwa nʼasigala mu kizikiza ekikutte ennyo.

Ebyʼobusika ebifune ngʼekiseera kyabyo tekinnatuuka, ku nkomerero tebiba na mukisa.

Okusula ku kasolya kʼennyumba, kisinga okubeera mu nnyumba nʼomukazi omuyombi.

Okubeera mu ddungu, kisinga okubeera nʼomukazi omuyombi anyiiganyiiga.

Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu, ne bwʼalikula talirivaamu.

Obusirusiru busibiddwa ku mutima gwʼomwana omuto, naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.

Tolekangayo kukangavvula mwana, bwʼomubonereza nʼakaggo tekimutta. Mubonerezenga nʼakaggo, kiwonye emmeeme ye okufa. Mwana wange, bwʼoba nʼomutima ogwʼamagezi, kinsanyusa. Nnaajjaguzanga okuva ku ntobo yʼomutima gwange, bwʼonooyogeranga ebituufu.

Wulirizanga kitaawo eyakuzaala, so togayanga nnyoko ngʼakaddiye. Gula amazima so togatunda, ffuna amagezi, nʼokuyigirizibwa nʼokutegeera. Kitaawe wʼomutuukirivu alina essanyu lingi, nʼoyo azaala omwana owʼamagezi amwenyumiririzaamu. Leka kitaawo ne nnyoko basanyuke, omukazi eyakuzaala ajaguzenga. Mwana wange mpa omutima gwo, nʼamaaso go geekalirize amakubo gange,

Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba, kisinga okubeera nʼomukazi omuyombi mu nnyumba.

Omukazi omuyombi ali ngʼenkuba etonnya olutata, ku lunaku olwʼenkuba ennyingi.

Oyo akuuma amateeka ga Mukama mwana eyeegendereza, naye mukwano gwʼabʼomululu akwasa kitaawe ensonyi.

Buli anyaga kitaawe, oba nnyina, nʼagamba nti, “Si nsonga,” afaanana nʼoyo azikiriza.

Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi, naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.

Kangavvula omwana wo, alikuwa emirembe, alireetera emmeeme yo essanyu.

Waliwo abo abakolimira bakitaabwe ne batasabira na bannyaabwe mukisa; abo abeeraba ngʼabatuukirivu bo mu maaso gaabwe, ate nga tebanaazibwangako bibi byabwe. Waliwo abo abʼamalala amayitirivu, abatunuza okwemanya okwʼekitalo,

Eriiso lyʼoyo anyooma kitaawe, era nʼatagondera nnyina, liriggibwamu bannamuŋŋoona abʼomu kiwonvu, ne liriibwa ensega.

Waliwo ebigambo bisatu ebyʼekitalo ennyo gye ndi, weewaawo bina bye sitegeera: Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga, nʼomusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja, nʼekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja, nʼengeri omusajja gye yeeyisaamu ngʼali nʼembeerera.

Ggwe mutabani wange, ggwe mutabani wʼenda yange, ggwe mutabani wʼobweyamo bwange. Tomaliranga maanyi go ku bakazi, newaakubadde amaanyi go ku abo abazikiriza bakabaka.

Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Wa muwendo nnyo okusinga amayinja agʼomuwendo ennyo. Bba amwesiga nʼomutima gwe gwonna, era bba talina kyonna kya muwendo kyʼabulwa. Aleetera bba essanyu so tamukola kabi, obulamu bwe bwonna. Anoonya ebyoya byʼendiga nʼanoonya ne ppamba, nʼakola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka. Ali ngʼebyombo byʼabasuubuzi, aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala. Agolokoka tebunnakya, nʼawa abʼomu nnyumba ye ebyokulya, nʼagabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egyʼokukola. Alowooza ku nnimiro nʼagigula; asimba ennimiro eyʼemizabbibu nʼebibala byʼemikono gye. Omukazi oyo akola nʼamaanyi omulimu gwe, emikono gye gikwata nʼamaanyi emirimu gye. Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba nʼabisuubula, era nʼettabaaza ye ekiro tezikira. Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe, engalo ze ne zikwata akati akalanga. Ayanjululiza abaavu omukono gwe, nʼagololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu. Mu biseera byʼobutiti taba na kutya, kubanga abʼomu nnyumba ye bonna baba nʼengoye ezʼokwambala. Yeekolera ebibikka obuliri bwe, era engoye ze za linena omulungi, za ffulungu. Bba amanyibbwa, yʼomu ku bakulu abakulembera ensi, era ateeseza mu nkiiko enkulu. Omukazi atunga ebyambalo ebya linena nʼabitunda, nʼaguza abasuubuzi enkoba. Amaanyi nʼekitiibwa bye byambalo bye, era tatya ebiro ebigenda okujja. Ayogera nʼamagezi, era ayigiriza ebyekisa. Alabirira nnyo empisa zʼabʼomu nnyumba ye, era talya mmere ya bugayaavu. Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa, ne bba nʼamutendereza ngʼayogera nti, “Abakazi bangi abakola ebyʼekitiibwa naye bonna ggwe obasinga.” Obubalagavu bulimba nʼendabika ennungi teriiko kyegasa, naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga. Mumusasule empeera gyʼakoleredde, nʼemirimu gye gimuweesenga ettendo ku miryango gyʼekibuga.

Ababiri basinga omu, kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe. Kubanga singa omu agwa, munne amuyimusa. Naye zimusanze oyo ali obwʼomu, bwʼagwa tabaako amuyimusa. Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma; naye oyo ali obwʼomu, ayinza atya okubuguma? Omu awangulwa mangu, kyokka ababiri bayinza okwerwanako. Kubanga omuguwa ogwʼemiyondo esatu tegukutuka mangu.

Ssanyukanga ne mukyala wo gwʼoyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bwʼakuwadde wansi wʼenjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kwʼoteganamu wansi wʼenjuba.

Nga bwʼotosobola kutegeera kkubo mpewo, oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto; bwʼotyo bwʼotosobola kutegeera Katonda Omutonzi wa byonna byʼakola.

Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ezʼobuvubuka bwo, ngʼennaku embi tezinnakutuukako nʼemyaka nga teginnasembera, mwʼolyogerera nti Sizisanyukira;

Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni, mulabe ku Kabaka Sulemaani ngʼayambadde engule, engule nnyina gye yamutikkira ku lunaku olwʼembaga ye, ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira.

Noolwekyo Mukama Katonda yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri.

Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, nʼokufuga kunaabanga ku bibegabega bye. Nʼerinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi wʼamagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe owʼEmirembe Gyonna, Omulangira wʼEmirembe.

Ngʼomukyala owʼolubuto anaatera okuzaala, bwʼalumwa nʼakaaba mu bulumi, bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi Mukama Katonda. Twali lubuto, twalumwa, naye twazaala mpewo Tetwaleeta bulokozi ku nsi, tetwazaala bantu ba nsi.

Akyali omulamu, yʼakutendereza nga nze bwe nkola leero; bakitaabwe bʼabaana babategeeza nga bwʼoli omwesigwa ennyo.

Mumpulirize mmwe ebizinga, mmwe muwulire kino amawanga agali ewala. Nnali sinazaalibwa Mukama nʼampita. Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange nʼayatula erinnya lyange.

“Nnyina wʼomwana ayinza okwerabira omwana we gwʼayonsa, nʼatasaasira mwana eyava mu lubuto lwe? Weewaawo, wadde ngʼayinza okumwerabira naye nze sirikwerabira.

Kubanga Omutonzi wo ye balo, Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye. Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo, Katonda owʼensi yonna, bwʼayitibwa. Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo, ngʼomukazi eyali alekeddwawo ngʼalina ennaku ku mutima; omukazi eyafumbirwa ngʼakyali muto, nʼalekebwawo,” bwʼayogera Katonda wo.

Nʼabaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; nʼemirembe gyʼabaana bo giriba mingi.

Nsanyukira nnyo mu Mukama, emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange. Kubanga annyambazizza ebyambalo ebyʼobulokozi era nʼanteekako nʼomunagiro ogwʼobutuukirivu, ngʼomugole omusajja bwʼayambala engule nga kabona, ngʼomugole omukazi bwʼayambala amayinja ge agʼomuwendo.

Kubanga ngʼomuvubuka bwawasa omuwala omuto bwʼatyo eyakutonda bwalikulabirira. Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gwʼawasizza, bwʼatyo Katonda bwalikusanyukira.

Ngʼomwana bwʼasanyusibwa nnyina, bwe ntyo bwe ndikuzzaamu amaanyi mu Yerusaalemi.”

“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo; nga tonnava mu lubuto nʼakutukuza. Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”

“Omusajja bwʼagoba mukazi we, omukazi oyo nʼagenda nʼafuuka owʼomusajja omulala, omusajja we alimukomyawo nate? Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo? Naye obadde nga malaaya, ngʼolina abasajja bangi; naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?” bwʼayogera Mukama.

Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa nʼebbaluwa eyʼokumugoba olwʼobwenzi bwe. Naye ate nʼendaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye nʼagenda nʼakola obwenzi.

“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bwʼayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.

ne mulekayo okunyigiriza omugwira, ne mulekwa, ne nnamwandu, ne mulekayo nʼokutta abataliiko musango mu kifo ekyo, era ne mutasinza bakatonda abalala okwereetera emisango mmwe bennyini, kale ndibatuuza mu kifo ekyo mu nsi gye nawa bajjajjammwe ebeere yammwe emirembe nʼemirembe.

Muwase muzaale abaana aboobulenzi nʼaboobuwala; muwasize batabani bammwe abakazi, ne bawala bammwe mubafumbize, nabo bazaale abaana abalenzi nʼabawala. Mweyongere obungi eyo, temukendeera.

“Kubanga tojjukira biseera ebyʼobuvubuka bwo, nʼonnyiiza nʼebintu ebyo byonna; kyendiva nkuleetako omusango olwʼebikolwa byo, bwʼayogera Mukama Katonda. Ku bukaba obwo bwonna si kwe wayongera ebikolwa ebyo byonna ebyʼekivve?” “Buli agera engero anaakugereranga olugero luno nga boogera nti, ‘Nnyina ne muwala we batyo.’

Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olwʼebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olwʼebibi ebyʼomwana we. Obutuukirivu bwʼomuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, nʼobutali butuukirivu bwʼoyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.’

Ne ŋŋamba abaana baabwe mu ddungu nti, Temugoberera biragiro bya bakitammwe, newaakubadde okukwata amateeka gaabwe, so temweyonoonyesanga ne bakatonda baabwe abalala.

Bataata ne bamaama banyoomebwa, era nʼabagenyi mu mmwe banyigirizibwa, era babonyaabonya bamulekwa ne bannamwandu.

Tebateekeddwa kuwasa ba nnamwandu newaakubadde eyanoba, naye banaawasanga abawala embeerera nga ba lulyo lwa Isirayiri oba nga bannamwandu ba bakabona.

Era ndikwogereza ennaku zonna, ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima, ne mu kwagala ne mu kusaasira. Ndikwogereza mu bwesigwa, era olimanya Mukama.

Mukibuulire abaana bammwe, nabo balikibuulira abaana baabwe, nabo balikibuulira abʼemirembe egiriddawo.

Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba, ngʼayambadde ebibukutu olwʼennaku.

“Awo olulituuka oluvannyuma lwʼebyo, ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza ebyʼomu maaso; abakadde baliroota ebirooto, nʼabavubuka bammwe balyolesebwa.

Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga bakkiriziganyizza?

Kubanga omulenzi agaya kitaawe, nʼomuwala alwanyisa nnyina, muka mwana nʼalwanyisa nnyazaala we. Abalabe bʼomuntu, bantu be, abʼomu nju ye bennyini.

“Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, ‘Musalenga emisango egyʼensonga, mukwatirweganenga ekisa nʼokusaasiragananga buli muntu eri muganda we. Temutulugunyanga bannamwandu, nʼabatalina bakitaabwe, nʼabatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu nʼomu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’

Kale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga Mukama yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo owʼomu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ngʼolimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano. Mukama Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we owʼomu buvubuka bwe. “Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bwʼayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, “nʼomusajja ajooga mukazi we,” bwʼayogera Mukama owʼEggye. Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa.

era alikomyawo omutima gwa bazadde eri abaana baabwe, nʼomutima gwʼabaana eri bazadde baabwe; nneme okukolimira ensi.”

Luno lwe Lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu. Ibulayimu yazaala Isaaka, Isaaka nʼazaala Yakobo, Yakobo nʼazaala Yuda ne baganda be. Yuda nʼazaala Perezi ne Zeera mu Tamali, Perezi nʼazaala Kezirooni, Kezirooni nʼazaala Laamu. Laamu yazaala Aminadaabu, Aminadaabu nʼazaala Nasoni, Nasoni nʼazaala Salumooni. Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu, Bowaazi nʼazaala Obedi mu Luusi. Obedi nʼazaala Yese. Yese yazaala Kabaka Dawudi, Dawudi nʼazaala Sulemaani mu eyali muka Uliya. Sulemaani yazaala Lekobowaamu, Lekobowaamu nʼazaala Abiya, Abiya nʼazaala Asa. Asa nʼazaala Yekosafaati, Yekosafaati nʼazaala Yolaamu, Yolaamu nʼazaala Uzziya. Uzziya nʼazaala Yosamu, Yosamu nʼazaala Akazi, Akazi nʼazaala Keezeekiya. Keezeekiya nʼazaala Manaase, Manaase nʼazaala Amosi, Amosi nʼazaala Yosiya. Yosiya nʼazaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera ekyʼokutwalibwa e Babulooni. Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni, Yekoniya nʼazaala Seyalutyeri, Seyalutyeri nʼazaala Zerubbaberi. Zerubbaberi nʼazaala Abiwuudi, Abiwuudi nʼazaala Eriyakimu, Eriyakimu nʼazaala Azoli. Azoli nʼazaala Zadooki, Zadooki nʼazaala Akimu, Akimu nʼazaala Eriwuudi. Eriwuudi nʼazaala Eriyazaali, Eriyazaali nʼazaala Mataani, Mataani nʼazaala Yakobo. Yakobo nʼazaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.

Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi nʼena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi nʼena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi nʼena.

Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ngʼakyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa nʼalabika ngʼali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu. Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi nʼasalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ngʼayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi. Naye bwe yali ngʼagalamidde ku kitanda kye ngʼakyabirowoozaako, nʼafuna ekirooto; nʼalaba malayika wa Mukama ngʼayimiridde wʼali, nʼamugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lwʼalina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga yʼalirokola abantu bonna mu bibi byabwe.” Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ngʼayita mu nnabbi we ngʼagamba nti, “Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa ‘Emmanweri,’ amakulu gaalyo nti, ‘Katonda ali naffe.’ ” Yusufu bwe yazuukuka, nʼakola nga Malayika bwe yamulagira, nʼatwala Maliyamu okuba mukazi we. Naye Yusufu nʼatamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu nʼamutuuma erinnya YESU.

Bwe baayingira mu nnyumba ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, nʼobubaane nʼomugavu.

Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lwʼabakulembeze bʼAbayudaaya nʼawozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena. “Bwʼobanga oli mu maaso ga Katonda, ngʼomuleetedde ekirabo ekyʼokuwaayo nga ssaddaaka, nʼojjukira nga waliwo gwʼolinako ensonga, ekirabo kyo sooka okireke awo oddeyo omale okumwetondera mutegeeragane, olyoke okomewo oweeyo ekirabo kyo eri Katonda.

Kyagambibwa nti, ‘Buli anaagobanga mukazi we, anaawanga omukazi oyo ebbaluwa eyʼokumugoba.’ Naye mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we wabula olwʼobwenzi anaabanga amwenzesezza, nʼoyo anaawasanga omukazi gwe bagobye anaabanga ayenze.”

“Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja? Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota? Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?

“Temulowooza nti Najja okuleeta emirembe ku nsi! Sajja kuleeta mirembe wabula ekitala. Kubanga najja okwawukanya omwana owoobulenzi ne kitaawe, nʼomwana owoobuwala ne nnyina nʼokwawukanya muka mwana ne nnyazaala we. Abalabe bʼomuntu banaabanga ba mu nju ye. “Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga Nze tansaanira, nʼoyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga Nze naye tansaanira.

Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe nʼabagamba nti, “Obwakabaka bwe bwawukanamu, oba ekibuga wadde amaka, tebiyinza kuyimirira.

Yesu bwe yali akyayogera nʼekibiina, nnyina ne baganda be ne batuuka ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye. Omuntu omu nʼamutegeeza nti, “Nnyoko ne baganda bo, bali wabweru baagala kwogera nawe.” Yesu nʼamuddamu nti, “Mmange ye ani era ne baganda bange be baani?” Nʼagolola omukono gwe eri abayigirizwa be nʼagamba nti, “Mulabe mmange ne baganda bange! Kubanga buli akola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”

Ne beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wʼomubazzi? Nnyina ye Maliyamu ne baganda be ba Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni ne Yuda. Ne bannyina babeera kuno. Kale, ebyo byonna yabiggya wa?” Ne bamunyiigira nga balowooza nti abeeragirako. Naye Yesu nʼabagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa mu buli kifo, okuggyako mu kitundu kyʼewaabwe ne mu nnyumba yʼewaabwe.”

Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Oyo anaavumanga kitaawe ne nnyina battanga mutte,’ Naye mmwe mugamba nti, Buli agamba kitaawe oba nnyina nti, ‘Ekirabo kye nandikuwadde nkiwaddeyo eri Katonda,’ omuntu oyo teyeetaaga kussaamu kitaawe kitiibwa. Noolwekyo tassaamu kitaawe oba nnyina kitiibwa. Bwe mutyo ne mudibya etteeka lya Katonda olwʼobulombolombo bwammwe.

Yesu nʼayita omwana omuto nʼamussa mu makkati gaabwe. Nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ngʼabaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obwʼomu ggulu. Noolwekyo buli eyeetoowaza ngʼomwana ono omuto yʼaliba asinga obukulu mu bwakabaka obwʼomu ggulu. “Na buli asembeza omwana omuto ngʼono mu linnya lyange ngʼasembeza Nze. Naye alyesitazza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”

“Mwekuume obutanyoomanga nʼomu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti Bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

“Muganda wo bwʼakusobyanga ogendanga gyʼali nʼomutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bwʼakkirizanga nʼakwetondera olwo ngʼoggyeemu omuntu mu muganda wo.

Awo Peetero nʼajja nʼabuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bwʼansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?” Yesu nʼamuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.”

Abafalisaayo ne bajja gyʼali bamugezese nga bagamba nti “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we olwʼensonga nʼemu?” Yesu nʼabaddamu nti, “Temusomanga nti, ‘Okuva ku lubereberye Katonda yatonda omusajja nʼomukazi,’ era nti, ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu, nga tebakyali babiri naye omuntu omu.’ Noolwekyo Katonda be yamala okugatta awamu omuntu taabaawukanyenga.” Ne bamubuuza nti, “Kale lwaki Musa yalagira nti Omusajja bwʼabanga agoba mukazi we amuwenga ebbaluwa eyʼokumugoba?” Yesu nʼabaddamu nti, “Olwʼobukakanyavu bwʼemitima gyammwe Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe, naye nga okuva olubereberye tekyali bwe kityo. Era mbagamba nti Omuntu yenna anaagobanga mukazi we okuggyako olwʼobwenzi, nʼamala awasa omulala, anaabanga ayenze, nʼoyo anaawasanga oyo agobeddwa anaabanga ayenze.” Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Obanga bwe biri bwe bityo, ekisingako obulungi bwe butawasiza ddala!”

Yesu ne bamuleetera abaana abato abasseeko emikono gye abawe nʼomukisa. Naye abayigirizwa ne bajunga abaabaleeta. Naye Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ngʼabo be bannannyini bwakabaka obwʼomu ggulu.”

Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olwʼerinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.

Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?” Yesu nʼabaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti, ‘Abaana abato nʼabawere abayonka balimutendereza!’ ”

“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga eyʼobugole. Nʼatuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga ne batayagala kujja. “Kabaka nʼabatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange nʼente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’

Noolwekyo mugende mu nguudo zʼomu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’ Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi nʼabalungi, ekisenge kyʼembaga ne kijjula abagenyi. “Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, nʼalaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. Kabaka nʼamubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina kyʼaddamu.

Ku lunaku olwo lwe lumu, Abasaddukaayo, abagamba nti, “Tewali kuzuukira,” ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza Musa yagamba nti ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda wʼomufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’ Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda owʼolubereberye nʼawasa, kyokka nʼafa nga tazadde mwana, bwʼatyo mukazi we nʼafumbirwa muganda we. Ekintu kye kimu ne kituuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku wʼomusanvu. Oluvannyuma nʼomukazi oyo naye nʼafa. Kale okuzuukira nga kutuuse omukazi oyo aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna abooluganda omusanvu yabafumbirwako.” Naye Yesu nʼabagamba nti, “Olwʼobutamanya byawandiikibwa nʼobutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama. Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu. Naye ebikwata ku kuzuukira kwʼabafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ngʼagamba nti, ‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”

Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo.

Nga bwe kyali mu biseera byʼamataba, abantu nga balya nga banywa, nga bawasa nʼabalala nga bafumbirwa, olunaku ne lutuuka Nuuwa nʼayingira mu lyato,

“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaananyizibwa nʼabawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole.

Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana bʼOkubwatuka.”

Nʼennyumba eyawukanye, teyinza kubeerawo.

Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gyʼali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo. Ekibiina kyʼabantu kyali kimwetoolodde, ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo ne bannyoko bali wabweru bakunoonya.” Naye nʼabaddamu nti, “Mmange ye ani, ne baganda bange be baani?” Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, nʼabagamba nti, “Bano be mulaba be bammange era be baganda bange! Kubanga buli muntu akola Katonda byʼasiima ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”

Ne beebuuza nti, “Ono si ye mwana wʼomubazzi? Maliyamu si ye nnyina, ne baganda be si be ba Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetubeera nabo kuno?” Ekyo ne kibatawanya mu mutima. Yesu nʼabagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa buli wantu okuggyako mu nsi ye waabwe ne mu bantu be ne mu maka ge waabwe.”

Musa yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ Era nʼagamba nti, ‘Omuntu yenna ayogera obubi ku kitaawe oba nnyina anattibwanga.’ Naye mmwe mugamba nti Kituufu omuntu okulagajjalira bakadde be nga bali mu kwetaaga nʼabagamba bugambi nti, ‘Mmunsonyiwe, kubanga kye nandibawadde ye Korubaani.’ ” “Omuntu temumukkiriza kubeerako kyʼakolera kitaawe oba nnyina. Bwe mutyo munyooma ekigambo kya Katonda mulyoke mutuukirize obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. Nʼebirala bingi ebiri ngʼebyo bye mukola.”

Nʼaddira omwana omuto nʼamussa wakati waabwe, nʼamusitula mu mikono gye nʼabagamba nti, “Buli asembeza omwana omuto ngʼono mu linnya lyange, aba asembezezza nze. Nʼoyo asembeza nze aba tasembezezza nze nzekka, wabula aba asembezezza nʼoyo eyantuma.”

“Na buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze, kwe kumusiba ejjinja eryʼolubengo olunene, nʼasuulibwa mu nnyanja.

Abamu ku Bafalisaayo ne bajja ne bamubuuza balyoke bamukwase, nga babuuza nti, “Kituufu omusajja okugoba mukyala we?” Yesu nʼaddamu nti, “Musa yagamba atya ku nsonga eyo?” Ne bamuddamu nti, “Musa yawa omusajja olukusa okuwandiikira mukyala we ebbaluwa emugoba.” Yesu nʼabagamba nti, “Olwʼemitima gyammwe emikakanyavu kyeyava abawandiikira etteeka lino. Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja nʼomukazi. Omusajja kyʼanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, nʼagenda nʼagattibwa ne mukazi we. Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta, omuntu takyawukanyanga.” Bwe baali mu nnyumba, abayigirizwa be, ne bongera okumubuuza ku nsonga eyo. Yesu nʼabagamba nti, “Omusajja bwʼagobanga mukazi we nʼawasa omukazi omulala, aba ayenze. Nʼomukazi bwʼayawukananga ne bba nʼafumbirwa omusajja omulala naye aba ayenze.”

Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta. Kyokka Yesu bwe yabiraba nʼanyiigira nnyo abayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda. Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ngʼomwana omuto, tagenda kubuyingira nʼakatono.” Awo nʼasitula abaana nʼabassaako emikono gye, nʼabawa omukisa.

Amateeka gano ogamanyi. ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”

Yesu nʼamuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu nʼomu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ngʼamaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka nʼamayumba olwʼokunjagala nʼokubuulira Enjiri, ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu nʼokuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo.

“Omuyigiriza, Musa yatuwa etteeka erigamba nti Omusajja omufumbo bwʼafanga nga tazadde baana, muganda wʼomufu awasenga nnamwandu wa muganda we oyo alyoke amuzaalire abaana. Waaliwo abooluganda musanvu, mukulu waabwe nʼawasa, Oluvannyuma nʼafa nga tazadde baana. Muto wʼomufu kwe kuwasa nnamwandu wa mukulu we, waayitawo akabanga katono naye nʼafa, nga naye tazadde mwana. Muganda wʼomufu amuddako nʼawasa nnamwandu oyo, naye nʼatazaala. Bonna omusanvu ne bafa ne baggwaawo. Oluvannyuma nʼomukazi naye nʼafa. Kale, mu kuzuukira kwʼabafu omukazi oyo aliba muka ani, kubanga bonna yabafumbirwako?” Yesu nʼabaddamu nti, “Ekibaleetedde omutawaana bwe butamanya byawandiikibwa, ate nga nʼobuyinza bwa Katonda nabwo temubutegeera. Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebagenda kufumbiriganwa, kubanga bonna baliba nga bamalayika bwe bali mu ggulu. Ate ebifa ku kuzuukira kwʼabafu, temusomanga mu kitabo Musa bwe yali ku kisaka Katonda nʼamugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu era Katonda wa Isaaka era Katonda wa Yakobo?’

“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe wʼomwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe ne babatta.

Naye malayika nʼamugamba nti, “Totya Zaakaliya! Kubanga okusaba kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erisabesi ajja kukuzaalira omwana wabulenzi. Olimutuuma erinnya Yokaana. Mwembi mulisanyuka nnyo ne mujaguza. Era bangi abalibasanyukirako olwʼokuzaalibwa kwe. Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ngʼakyali mu lubuto lwa nnyina. Era alireetera abaana ba Isirayiri bangi okudda eri Mukama Katonda waabwe. Aliweerereza mu mwoyo ne mu maanyi aga nnabbi Eriya, nʼakyusa emitima gyʼaba kitaabwe okudda eri abaana baabwe, nʼokukyusa emitima gyʼabajeemu okudda eri amagezi gʼabatuukirivu alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”

Awo mu mwezi ogwʼomukaaga, Katonda nʼatuma malayika Gabulyeri mu kibuga Nazaaleesi ekyʼomu Ggaliraaya eri omuwala erinnya lye Maliyamu, nga tamanyi musajja, eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu, owʼomu lulyo lwa Dawudi. Awo Gabulyeri nʼalabikira Maliyamu nʼamulamusa nti, “Mirembe! Ggwe aweereddwa omukisa! Mukama ali naawe!” Maliyamu nʼatya, nʼabulwa nʼekyokwogera, ngʼokulamusa okwo kumutabudde, nga nʼamakulu gaakwo tagategeera. Awo malayika nʼamugamba nti, “Totya, Maliyamu, kubanga olabye ekisa mu maaso ga Katonda. Kubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu. Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana wʼOyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe eyʼobwakabaka eya jjajjaawe Dawudi. Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era nʼobwakabaka bwe tebulikoma.” Awo Maliyamu nʼabuuza malayika nti, “Ekyo kiriba kitya? Kubanga simanyi musajja.” Malayika nʼamuddamu nti, “Mwoyo Mutukuvu alikukkako, nʼamaanyi gʼOyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, nʼomwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda.

Naye Maliyamu bwe yalamusa Erisabesi, omwana eyali mu lubuto lwa Erisabesi nʼabuukabuuka era nʼajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu. Erisabesi nʼalyoka ayogerera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Oweereddwa omukisa, ggwe mu bakazi, era nʼomwana ali mu lubuto lwo aweereddwa omukisa. Nga nfunye ekitiibwa kinene ggwe nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira! Kubanga bwʼoyingidde nʼonnamusa, omwana ali mu lubuto lwange oluwulidde ku ddoboozi lyo ne yeekyusakyusa olwʼessanyu!

Awo Yusufu nʼava e Nazaaleesi ekyʼe Ggaliraaya, nʼagenda mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu ekyʼe Buyudaaya, kubanga yali wa mu kika kya Dawudi, yeewandiise ne Maliyamu eyali olubuto, oyo gwe yali ayogereza. Naye bwe baali bali eyo ekiseera kya Maliyamu ekyʼokuzaala ne kituuka. Nʼazaala omwana we omubereberye omulenzi, nʼamubikka mu bugoye, nʼamuzazika mu lutiba ente mwe ziriira, kubanga tebaafuna kifo mu nnyumba yʼabagenyi.

Olunaku olwʼomunaana olwʼokukomolerwako bwe lwatuuka, nʼatuumibwa erinnya YESU, malayika lye yayogera nga Yesu tannaba kuba mu lubuto lwa nnyina. Awo ekiseera bwe kyatuuka Maliyamu okugenda mu Yeekaalu atukuzibwe, ngʼamateeka ga Musa bwe galagira ne batwala Yesu e Yerusaalemi okumuwaayo eri Mukama. Kubanga mu mateeka ago, Katonda yalagira nti, “Omwana omubereberye bwʼanaabanga omulenzi, anaaweebwangayo eri Mukama.”

Awo bazadde be bwe baamulaba ne beewuunya nnyo, nnyina nʼamugamba nti, “Mwana waffe otukoze ki kino? Kitaawo nange tweraliikiridde nnyo nga tukunoonya!” Yesu nʼabaddamu nti, “Mubadde munnoonyeza ki? Temwategedde nga kiŋŋwanidde okukola ebintu bya Kitange?” Naye ne batategeera bigambo ebyo bye yabagamba. Nʼasituka nʼagenda nabo e Nazaaleesi, nʼabagonderanga; kyokka nnyina ebigambo ebyo byonna nʼabikuuma mu mutima gwe,

Yesu yali awezezza emyaka ngʼamakumi asatu bwe yatandika omulimu gwe. Yesu nga bwe kyalowoozebwa, yali mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Eri, Eri nga mwana wa Mattati, ne Mattati nga mwana wa Leevi, ne Leevi nga mwana wa Mereki, ne Mereki nga mwana wa Yanayi, ne Yanayi nga mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Amosi, ne Amosi nga mwana wa Nakkumu, ne Nakkumu nga mwana wa Esuli, ne Esuli nga mwana wa Naggayi, ne Naggayi nga mwana wa Maasi, ne Maasi nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Semeyini, ne Semeyini nga mwana wa Yoseki, ne Yoseki nga mwana wa Yoda, ne Yoda nga mwana wa Yokanaani, ne Yokanaani nga mwana wa Lesa, ne Lesa nga mwana wa Zerubbaberi, ne Zerubbaberi nga mwana wa Seyalutyeri, ne Seyalutyeri nga mwana wa Neeri, ne Neeri nga mwana wa Mereki, ne Mereki nga mwana wa Addi, ne Addi nga mwana wa Kosamu, ne Kosamu nga mwana wa Erumadamu, ne Erumadamu nga mwana wa Eri, ne Eri nga mwana wa Yoswa, ne Yoswa nga mwana wa Eryeza, ne Eryeza nga mwana wa Yolimu, ne Yolimu nga mwana wa Mattati, ne Mattati nga mwana wa Leevi, ne Leevi nga mwana wa Simyoni, ne Simyoni nga mwana wa Yuda, ne Yuda nga mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Yonamu, ne Yonamu nga mwana wa Eriyakimu, ne Eriyakimu nga mwana wa Mereya, ne Mereya nga mwana wa Menna, ne Menna nga mwana wa Mattasa, ne Mattasa nga mwana wa Nasani, ne Nasani nga mwana wa Dawudi, ne Dawudi nga mwana wa Yese, ne Yese nga mwana wa Obedi, ne Obedi nga mwana wa Bowaazi, ne Bowaazi nga mwana wa Salumooni, ne Salumooni nga mwana wa Nakusoni, ne Nakusoni nga mwana wa Amminadaabu, ne Aminadaabu nga mwana wa Aluni, ne Aluni nga mwana wa Kezilooni, ne Kezulooni nga mwana wa Pereezi, ne Pereezi nga mwana wa Yuda, ne Yuda nga mwana wa Yakobo, ne Yakobo nga mwana wa Isaaka, ne Isaaka nga mwana wa lbulayimu, ne Ibulayimu nga mwana wa Teera, ne Teera nga mwana wa Nakoli, ne Nakoli nga mwana wa Serugi, ne Serugi nga mwana wa Lewu, ne Lewu nga mwana wa Peregi, ne Peregi nga mwana wa Eberi, ne Eberi nga mwana wa Seera, ne Sera nga mwana wa Kayinaani, ne Kayinaani nga mwana wa Alupakusaadi, ne Alupakusaadi nga mwana wa Seemu, ne Seemu nga mwana wa Nuuwa, ne Nuuwa nga mwana wa Lameka, ne Lameka nga mwana wa Mesuseera, ne Mesuseera nga mwana wa Enoki, ne Enoki nga mwana wa Yaledi, ne Yaledi nga mwana wa Makalaleri, ne Makalaleri nga mwana wa Kayinaani, ne Kayinaani nga mwana wa Enosi, ne Enosi nga mwana wa Seezi, ne Seezi nga mwana wa Adamu, ne Adamu nga mwana wa Katonda.

Awo nnyina ne baganda ba Yesu ne bajja okumulaba, naye ne batasobola kumutuukako olwʼekibiina kyʼabantu ekinene. Ne wabaawo amubuulira nti, “Nnyoko ne baganda bo obwedda bayimiridde wabweru, baagala kukulabako.” Yesu nʼaddamu nti, “Mmange ne baganda bange be bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”

“Ani ku mmwe kitaawe wʼomwana, omwana we ngʼamusabye ekyennyanja, mu kifo kyʼekyennyanja nʼamuwa omusota? Oba ngʼamusabye eggi nʼamuwa enjaba? Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”

Kitaawe wʼomwana alyawukana ne mutabani we, nʼomwana nʼayawukana ne kitaawe, ne nnyina wʼomwana alyawukana ne muwala we nʼomuwala nʼayawukana ne nnyina, ne nnyazaala balyawukana ne muka mwana we ne muka mwana nʼayawukana ne nnyazaala we.”

“Omuntu bwʼanajjanga gye ndi, nʼatakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we nʼabaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange. Era oyo ateetikka musaalaba gwe nʼangoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.

Awo Yesu nʼabagamba nti, “Waaliwo omusajja eyalina batabani be babiri. Omuto nʼagamba kitaawe nti, ‘Kitange, nkusaba ompe omugabo gwange ku bintu byo ogunsaanidde.’ Kitaawe nʼabagabanyiza ebintu byabwe. “Waayitawo ennaku ntono, omwana omuto nʼasibako ebintu bye byonna ne yeetambulira, nʼagenda mu nsi eyʼewala. Bwe yatuuka eyo nʼasaasaanya ebintu bye ne yeemalira mu binyumu. Mu kiseera ekyo we yamalirawo ebintu bye byonna, nʼenjala nnyingi we yagwira mu nsi omwo mwe yali, nʼasiibanga era nʼasulanga enjala. Nʼagenda abeere ewʼomwami omu owʼomu nsi omwo nʼamusaba amuwe omulimu, nʼamusindika gye yalundiranga embizzi azirabirirenga. Omulenzi ne yeegombanga okulyanga ebikuta byʼembizzi, naye ne watabaawo amuwa kantu konna. “Naye bwe yeddamu nʼagamba nti, ‘Eka ewaffe, abasajja abapakasi aba kitange bafuna emmere nnyingi ne balya ne balemwa, naye nze ndi wano nfiira wano enjala! Nnaagenda eri kitange, mugambe nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go, era sikyasaanira na kuyitibwa mwana wo. Nfunira omulimu mbeere ngʼabapakasi bo.’ “Bwʼatyo nʼasitula nʼaddayo ewa kitaawe. Naye bwe yali ngʼakyaliko wala nʼawaka, kitaawe nʼamulengera ngʼajja, nʼamusaasira nnyo. Kitaawe ngʼajjudde amaziga nʼamusisinkana, nʼamugwa mu kifuba nʼamunywegera. Omwana nʼagamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’ “Naye kitaawe nʼalagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze nʼengatto! Era mugende mutte ennyana eya ssava. Tufumbe embaga nnene tujaguze. Kubanga mutabani wange ono yali afudde kaakano mulamu, yali azaaye laba wuuno azaawuse.’ Embaga nʼetandika.

“Omusajja yenna agoba mukazi we nʼawasa omulala aba ayenze; nʼoyo awasa omukazi agobeddwa, naye aba ayenze.”

Mwekuume. “Muganda wo bwʼayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga. Ne bwʼakusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi nʼajja gyʼoli nʼakwenenyeza, musonyiwenga.”

Lumu ne wabaawo abaaleetera Yesu abaana baabwe abato abakwateko abawe omukisa. Naye abayigirizwa bwe baakiraba ne bajunga abaabaleeta. Naye Yesu abaana nʼabayita, nʼagamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be bʼobwakabaka bwa Katonda. Ddala ddala mbagamba nti Atayaniriza bwakabaka bwa Katonda ngʼomwana omuto, talibuyingiramu nʼakatono.”

Yesu nʼaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Teri muntu nʼomu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olwʼobwakabaka bwa Katonda, atalifuna mirundi mingi nʼokusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.”

Awo abamu ku Basaddukaayo abatakkiririza mu kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza, amateeka ga Musa gagamba nti Singa omusajja omufumbo afa nga tazadde baana, muganda we awasenga nnamwandu alyoke afunire muganda we omufu ezzadde. Waaliwo abooluganda musanvu, asinga obukulu nʼawasa, kyokka nʼafa nga talese mwana. Adda ku mufu nʼawasa nnamwandu; kyokka naye nʼafa nga tazadde mwana. Okutuusa abooluganda bonna lwe baafa ne baggwaawo nga buli omu awasizza ku nnamwandu oyo, kyokka nga tewali alese mwana. Oluvannyuma nʼomukazi naye nʼafa. Kale mu kuzuukira omukazi oyo aliba muka ani? Kubanga abooluganda bonna omusanvu baamuwasa!” Yesu nʼaddamu nti, “Obufumbo buli kuno ku nsi, abantu kwe bawasiza era ne bafumbirwa. Naye abo abasaanyizibwa okuzuukira mu bafu bwe batuuka mu ggulu tebawasa wadde okufumbirwa,

Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kwʼomubiri, wadde okwagala kwʼomuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda.

Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga eyʼobugole mu Kaana ekyʼe Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo.

Nannyini mugole ye awasizza, naye mukwano nnannyini mugole ayimirira ngʼamuwulidde, era asanyukira nnyo eddoboozi lyʼoyo awasizza. Noolwekyo essanyu lyange lituukiridde. Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.”

Yesu nʼamugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.” Omukazi nʼamuddamu nti, “Sirina baze!” Yesu nʼamugamba nti, “Oyogedde kituufu nti Tolina balo. Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gwʼolina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”

Awo Kitaawe wʼomulenzi nʼajjukira nga kyʼekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo nʼabʼenju ye bonna ne bakkiriza.

Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti, ‘Nava mu ggulu?’ ”

Awo Yesu bwe yali ngʼatambula, nʼalaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe wʼamaaso. Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe wʼamaaso?” Yesu nʼaddamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye.

Siribaleka nga bamulekwa, ndikomawo gye muli.

Omukazi ngʼazaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bwʼamala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olwʼessanyu eryʼokuzaala omuntu mu nsi.

Okumpi nʼomusaalaba gwa Yesu waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, ne Maliyamu muka Kuloopa, ne Maliyamu Magudaleene. Yesu bwe yalaba nnyina, era nʼomuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ennyo ngʼayimiridde awo, nʼagamba nnyina nti, “Maama, laba omwana wo.” Ate nʼagamba omuyigirizwa nti, “Laba maama wo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo nʼatwala nnyina Yesu eka ewuwe.

Abo bonna ne beeweerayo ddala nʼomutima gumu okusaba wamu nʼabakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.

‘Olulituuka mu nnaku ezʼoluvannyuma, bwʼayogera Katonda, ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi; nʼabavubuka bammwe balyolesebwa, nʼabakadde baliroota ebirooto.

Kubanga ekisuubizo kiri eri mmwe nʼeri abaana bammwe, nʼeri bonna abali mu nsi ezeewala abalikoowoola Mukama Katonda waffe.”

Yali ayagala nnyo Katonda era ngʼamusaamu nnyo ekitiibwa, ye nʼabʼomu maka ge bonna, ngʼagabira nnyo abaavu, era ngʼasaba Katonda bulijjo.

ajje akutegeeze ggwe nʼabʼomu nnyumba yo nga bwe muyinza okulokolebwa!’”

Bwʼatyo nʼabatizibwa nʼabʼomu nnyumba ye bonna. Nʼatuyita tumukyalire mu maka ge, ngʼagamba nti, “Obanga mukakasa nti Nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” Nʼatuwaliriza.

Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe nʼennyumba yo yonna.” Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye nʼabʼomu maka ge bonna. Mu kiseera ekyo kyennyini nʼabatwala nʼabanaaza ebiwundu. Era ye nʼabʼomu maka ge bonna ne babatizibwa. Omukuumi wʼekkomera nʼabatwala mu nnyumba ye, nʼabawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.

Ka mbawe ekyokulabirako: mu mateeka omukazi omufumbo, asigala nga wa bba, bba bwʼaba ngʼakyali mulamu. Naye bba bwʼafa, omukazi oyo ngʼasumuluddwa mu tteeka eribagatta. Noolwekyo omukazi oyo bwe yeegatta nʼomusajja omulala, bba ngʼakyali mulamu, omukazi oyo anaayitibwanga mwenzi. Naye bba bwʼafanga, olwo omukazi omufumbo anaabanga asumuluddwa mu tteeka, era taabenga mwenzi bwʼanaafumbirwanga omusajja omulala.

kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda. Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bwʼoyo tumukoowoola nti Aba, Kitaffe. Omwoyo yennyini akakasiza wamu nʼomwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda. Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.

Ebitonde birindirira nʼessuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa. Kubanga ebitonde tebyafugibwa butaliimu nga byeyagalidde, wabula ku bwʼoyo eyabifugisa, mu kusuubira. Ebitonde birifuulibwa bya ddembe okuva mu kufugibwa okuvunda ne bigabanira wamu nʼabaana ba Katonda ekitiibwa ekyʼokuba mu ddembe. Tumanyi ngʼebitonde byonna bisinda era ne birumwa ngʼomukazi alumwa okuzaala bwʼabeera.

Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo. Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo.

Kaakano ku bintu bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. Naye olwʼebikolwa ebyʼobwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we; era na buli mukazi abeerenga ne bba. Omusajja ateekwa okutuukirizanga ebyʼobufumbo byonna eri mukazi we era nʼomukazi bwʼatyo. Kubanga omukazi bwʼafumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era nʼomusajja bwʼatyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we yʼaba agulinako obuyinza. Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga eryʼokusabiramu nʼoluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olwʼobuteefuga bwammwe. Naye kino nkyogera mu ngeri ya kukkiriziganya so si mu ngeri ya kuwa kiragiro. Nandyagadde buli omu abeere nga nze; naye buli muntu alina ekirabo ekikye ku bubwe ekiva eri Katonda, omu mu ngeri emu nʼomulala mu ngeri endala.

Naye njogera eri abo abatannawasa ne bannamwandu; kirungi okusigala nga bwe bali, era nga nze bwe ndi. Naye bwe baba tebasobola kwefuga bafumbirwe, oba bawase, kubanga okufumbiriganwa kisinga okwakiriranga okwʼokwegomba. Naye abafumbo mbawa etteeka eriva eri Mukama waffe: omukazi tanobanga ku bba. Singa baawukana, omukazi ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo addeyo ewa bba basonyiwagane; nʼomusajja tagobanga mukazi we.

Abalala njogera gye bali kubanga si tteeka eriva eri Mukama waffe, naye mbagamba nti owooluganda bwʼabeera nʼomukazi atali mukkiriza ngʼayagala okubeera naye, tamugobanga. Era omukazi omukkiriza alina bba atali mukkiriza naye ngʼamwagala, tamuvangako. Kubanga omusajja atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ngʼayambibwa mukyala we omukkiriza, oba omukyala atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ngʼayambibwa bba omukkiriza. Kubanga bwe kitaba ekyo abaana bammwe banditwaliddwa ngʼabatali balongoofu naye ku lwʼekyo abaana bammwe baba balongoofu. Kyokka oyo atali mukkiriza bwʼayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo omusajja omukkiriza oba omukyala taasibwenga mu ekyo, kubanga Katonda ayagala abaana be okubeera nʼeddembe. Ggwe omukazi omukkiriza omanyi otya ngʼolirokola balo? Oba ggwe omusajja omukkiriza omanyi otya ngʼolirokola mukazi wo?

Naye ku kyʼabatafumbirwanga wadde okuwasa, sirina kiragiro kiva eri Mukama wabula Mukama mu kusaasira kwe yampa amagezi agayinza okwesigibwa kwe nnaasinziira okubawa ekirowoozo kyange. Kino nkirowooza nga kirungi, olwʼembeera eya kaakano, nga kirungi omuntu okusigala nga bwʼali. Obanga oli mufumbo tosaanye kwawukana na munno. Naye obanga wayawukana nʼomukazi, tonoonya wa kuwasa. Kyokka omusajja bwʼawasa aba tayonoonye, era nʼembeerera bwʼafumbirwa naye aba tayonoonye. Wabula abafumbo, obufumbo bujja kubaleetera emitawaana gye nandiyagadde mwewale. Naye kino kye mbategeeza abooluganda nti Ekiseera kiyimpawadde. Noolwekyo abo abalina abakazi babe ngʼabatabalina.

Naye kye mbagaliza mmwe bwe buteraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku bya Mukama, engeri gyʼasanyusa Mukama. Naye omufumbo yeeraliikirira bya nsi, nga bwʼanaasanyusa mukazi we; aba yeesazeemu, ngʼatta aga nʼaga. Nʼomukazi atali mufumbo nʼembeerera bafaayo ku bintu bya Mukama, babeerenga batukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, engeri gyʼanaasanyusaamu bba. Bino mbyogera olwʼokubagasa, so si kubaziyiza kuwasa na kufumbirwa. Kubanga njagala musobole okuweereza Mukama nga tewali birala bibaziyiza okweweerayo ddala.

Omusajja bwʼalowooza nti Aba teyeeyisizza bulungi eri omuwala oyo gwʼayogereza bwʼatamuwasa, bwe bafumbiriganwa, aba tayonoonye. Naye oyo asobola okwefuga ngʼalina omutima omunywevu, nʼasalawo awatali kuwalirizibwa nti Omuwala tajja kumuwasa, aba asazeewo bulungi. Kale oyo awasa omuwala gwʼayogereza aba akoze bulungi, naye oyo atamuwasa yʼaba asinze okukola obulungi. Omukazi omufumbo abeera kitundu kya bba, bba bwʼaba akyali mulamu. Naye bba bwʼafa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gwʼayagala, kyokka omusajja oyo ateekwa kuba mu Mukama waffe yekka. Naye nze ndowooza nti alina omukisa oyo singa taddayo kufumbirwa. Era ndowooza nga nange nnina Omwoyo wa Katonda.

Kyokka njagala mutegeere nti Kristo ye mutwe gwa buli muntu, nʼomusajja gwe mutwe gwa mukazi we. Era Katonda ye mutwe gwa Kristo. Noolwekyo omusajja yenna bwʼasaba oba bwʼayogera ebyʼobunnabbi nga taggyeko kibikka ku mutwe gwe, aba aswaza omutwe gwe. Nʼomukazi bwʼasaba oba nʼayogera ebyʼobunnabbi nga tabisse mutwe gwe aba tawadde bba kitiibwa kubanga kyekimu nʼoyo amwereddwako enviiri. Obanga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale enviiri ze azisalengako. Naye obanga omukazi kimuswaza enviiri ze okuzisalako oba okuzimwako, kale ateekwa omutwe gwe okugubikkangako. Omusajja tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi nʼekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye kyʼekitiibwa kyʼomusajja. Kubanga omusajja teyatondebwa ngʼaggibwa mu mukazi, wabula omukazi owʼolubereberye ye yaggyibwa mu musajja. Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olwʼomusajja. Kale olwʼensonga eyo, omukazi kimusaanira okubikkanga ku mutwe gwe, okulaga nti Afugibwa era ne bamalayika bakirabe. Kyokka mu Mukama waffe, omukazi nʼomusajja, buli omu yeetaaga munne. Kuba, newaakubadde ngʼomukazi ava mu musajja, naye buli musajja azaalibwa mukazi; kyokka byonna biva eri Katonda. Kale nammwe bennyini mwebuuze obanga kisaana omukazi okusaba Katonda nga tabisse ku mutwe. Obuzaaliranwa tebubalaga ngʼomusajja bwʼaba nʼenviiri empanvu tekimuweesa kitiibwa, ate ngʼomukazi ye zimuweesa kitiibwa? Kubanga yaweebwa enviiri empanvu okumubikkako. Naye obanga waliwo ayagala okuwakanya bino, tetulinaayo nkola nga eyo, wadde mu Kkanisa za Katonda.

Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima. Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.

Bwe nnali omuto, nayogeranga ngʼomuto, nalowoozanga ngʼomuto, ne byonna nga mbiraba mu ngeri ya kito. Naye bwe nakula ne ndeka ebyʼekito.

abakazi basirikenga busirisi mu kuŋŋaaniro, kubanga tebakkirizibwa kwogera, wabula okukulemberwa ngʼamateeka bwe gagamba. Bwe wabangawo kye baagala okubuuza babuuzenga babbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogera mu Kkanisa. Kale mulowooza nti Ekigambo kya Katonda kyatandikira mu mmwe oba nti Mmwe be kyatuukako mwekka? Omuntu yenna alowooza okuba nnabbi oba omuntu owʼomwoyo, ategeere mu bujjuvu nti Bino bye mbawandiikira kye kiragiro kya Mukama. Naye omuntu yenna atabifaako naye si wa kufiibwako.

Temwegattanga wamu nʼabatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati wʼobutuukirivu nʼobujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati wʼekitangaala nʼekizikiza? Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gwʼalina nʼatali mukkiriza? Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti, “Nnaabeeranga mu bo era natambuliranga mu bo, nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.” “Noolwekyo muve wakati mu bo, mubeeyawuleko, bwʼayogera Mukama. Temukwata ku bitali birongoofu, nange nnaabaaniriza.” “Nʼabeeranga Kitammwe, nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,” bwʼayogera Mukama Ayinzabyonna.

Mbakwatirwa obuggya, obuggya bwa Katonda, kubanga naboogereza omusajja omu, nga muli mbeerera zennyini, ne mbawaayo eri Kristo;

Naye ŋŋamba nti Omusika bwʼaba ngʼakyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga ye mukama wa byonna. Afugibwa abasigire nʼabawanika okutuusa lwʼakula nʼatuuka ku kigero kitaawe, kye yategeka.

Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo wʼOmwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti Aba, Kitaffe. Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana; era nga bwʼoli omwana oli musika ku bwa Katonda.

Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ngʼabaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogwʼokuyigiriza okwʼabantu abakuusa, mu nkwe olwʼokugoberera enteekateeka eyʼobulimba.

Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. Omusajja gwe mutwe gwʼomukazi, nga Kristo bwʼali omutwe gwʼEkkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. Kale ngʼEkkanisa bwʼewulira Kristo, nʼabakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga babbaabwe mu byonna. Nammwe abasajja mwagalenga bakazi bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. Yaginaaza nʼamazzi, nʼagitukuza nʼekigambo kye, alyoke yeefunire Ekkanisa eyʼekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. Nʼabasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. Tewali nʼomu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bwʼajjanjaba Ekkanisa ye, kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. “Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti Kyogera ku Kristo nʼEkkanisa ye. Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era nʼomukazi assengamu bba ekitiibwa.

Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: Bwʼonoobanga obulungi, era nʼowangaala ku nsi. Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.

Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe. Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe. Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo kyʼekisanyusa Katonda. Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.

tulyoke tulabike ngʼabatume ba Kristo abʼamaanyi. Naye twefuula ngʼabaana abato mu maaso gammwe, nga nnyina wʼabaana bwe yandyagadde abaana be,

nga bwe mumanyi nga twali kitaawe wa buli omu ku mmwe nga kitaawe wʼabaana bwʼabeera eri abaana be,

Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu nʼamayinja agʼomuwendo, wadde okwambala engoye ezʼomuwendo ennyo. Wabula babe nʼebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa. Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga nga yeewombeese. Sikkiriza mukazi kuyigiriza wadde okuba nʼobuyinza ku musajja, wabula asaana asirikenga. Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Kaawa. Era Adamu si ye yasendebwasendebwa, wabula mukazi ye yasendebwasendebwa, nʼagwa mu kibi. Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala abaana, bwʼananywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala ne mu butukuvu, ne mu kwegendereza.

Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ngʼamanyi okuyigiriza. Tateekwa kuba mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula omuwombeefu, nga si muyombi era nga talulunkanira nsimbi. Ateekwa kuba ngʼafuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa. Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda?

Nʼabakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu. Omudiikoni ateekwa okuba nʼomukazi omu yekka, era ngʼasobola okufuga obulungi abaana be, nʼamaka ge.

Tokambuwaliranga musajja mukulu, wabula omubuuliriranga nga kitaawo. Abavubuka bayisenga nga baganda bo, abakazi abakadde bayisenga ngʼabazadde bo, abato nga bannyoko, ngʼomutima gwo mulongoofu ddala. Bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa. Nnamwandu bwʼabanga nʼabaana oba abazzukulu basookenga okuyiga ebyo ebikolebwa mu maka ge waabwe, nga bassaayo omwoyo ku bazadde baabwe era nʼokubalabirira. Kubanga ekyo kisanyusa Katonda.

Naye omuntu yenna bwʼatalabirira bantu be, na ddala abʼomu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.

Nnamwandu awezezza emyaka enkaaga ye yekka anaawandiikibwanga ku lukalala lwa bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu, nga yakolanga ebikolwa ebirungi, oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga abanyigirizibwa, era oba nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri. Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga okubateeka ku lukalala lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa, bwe batyo ne bessaako omusango olwʼobutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza. Nʼekirala bayiga okubeera abagayaavu ne batambulatambula mu buli nnyumba, so si bugayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe ne boogera nʼebitasaana. Kyenva njagala bannamwandu abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako kibi. Kubanga bannamwandu abamu bakyamye ne bagoberera Setaani. Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu abʼolulyo lwe abalabirirenga, Ekkanisa ereme okuzitoowererwa, kiryoke kisoboke okulabirira bannamwandu abataliiko abayamba.

Kyokka ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era nʼobikkiririza ddala, ngʼomanyi abaabikuyigiriza bwe bali. Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula owʼamagezi, nʼolokolebwa olwʼokukkiriza Kristo Yesu.

Omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja alina omukazi omu, era nga nʼabaana baabwe bakkiriza, nga tebalina kibi kiyinza kuboogerwako era nga tebeenyigira mu bikolwa bya buseegu oba mu bujeemu.

balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga babbaabwe awamu nʼabaana baabwe. Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.

Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona.

Nuuwa bwe yalabulwa ku bintu bye yali tannalaba, nʼatya, era mu kukkiriza nʼazimba eryato olwʼokulokola ennyumba ye. Bwʼatyo nʼasalira ensi omusango, ate nʼafuuka omusika wʼobutuukirivu obuli mu kukkiriza.

Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ngʼabaana be? Agamba nti, “Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama, so toggwangamu maanyi ngʼakunenyezza. Kubanga Mukama gwʼayagala amukangavvula, Era abonereza buli gwʼayita omwana we.” Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ngʼabaana be. Mwana ki kitaawe gwʼatakangavvula? Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala. Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe abʼomubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe wʼemyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu?

Obufumbo mubussangamu ekitiibwa nʼebirayiro byabwo, kubanga abakaba nʼabenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.

Eddiini entuufu etaliiko bbala mu maaso ga Katonda Kitaffe, yʼeyo eyʼomuntu alabirira bamulekwa ne bannamwandu era nga yeekuuma ensi gyʼalimu ereme kumuletako bbala.

Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, naye omu ku mmwe nʼamugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? Noolwekyo nʼokukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.

Abakazi abafumbo, mu ngeri yʼemu muwulirenga babbammwe, bwe waba nga waliwo abatagondera kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olwʼempisa zammwe ennungi ne bwe muba nga temuliiko kye mubagambye. Kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennungi nga mubassaamu ekitiibwa. Okweyonja kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu: nga mu misono gyʼenviiri nʼegyʼamajjolobera agʼebyo ebyambalwa mu bulago ne ku matu, nʼegyʼebyambalo. Naye kube kwa mu mutima munda; okweyonja okutayonooneka okwʼomwoyo omuwombeefu era omuteefu, era okwo kwe kwʼomuwendo ennyo mu maaso ga Katonda. Kubanga nʼabakazi abʼedda abatukuvu abaasuubiriranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga era nga bawulize eri babbaabwe. Saala bwʼatyo bwe yali; yawuliranga nnyo Ibulayimu, ngʼamussaamu ekitiibwa ngʼamuyita mukama we. Kale obanga mwagala okuba bawala ba Saala, mubenga ba mpisa nnungi, olwo tewaabengawo kibatiisa kyonna. Nammwe abasajja abafumbo, mutegeere nga bakazi bammwe banafu, noolwekyo mubakwatenga nʼobwegendereza. Era mubassengamu ekitiibwa nga mumanyi nga nabo Katonda alibaweera wamu nammwe, obulamu obutaggwaawo. Bwe munaakolanga bwe mutyo okusaba kwammwe tekuziyizibwenga. Ekyʼenkomerero, mwenna mubenga nʼemmeeme emu, buli omu alumirirwenga munne, era mwagalanenga ngʼabooluganda ddala, mubenga ba kisa era beetoowaze.

Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka nʼobuwombeefu kubanga “Katonda akyawa abʼamalala naye abawombeefu abawa omukisa.”

Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa. Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye. Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olwʼabooluganda. Buli alina ebintu ebyʼomu nsi nʼalaba muganda we nga yeetaaga, naye nʼabulwako kyʼamuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye?

Nasanyuka nnyo, bwe nasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima nga bwe twalagirwa Kitaffe.

Tewali kindeetera ssanyu lisinga ngʼeryo lye nfuna bwe mpulira nti Abaana bange batambulira mu mazima.

Ne wabaawo ekyewuunyo ekinene mu ggulu. Ne ndaba omukazi ngʼayambadde enjuba nʼomwezi nga guli wansi wa bigere bye, ngʼalina engule eyaliko emmunyeenye kkumi na bbiri ku mutwe gwe. Yali lubuto era ngʼakaaba ngʼalumwa okuzaala. Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu nʼamayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu. Ku mukira gwʼogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼemmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso gʼomukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa. Omukazi nʼazaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna nʼomuggo ogwʼekyuma, amangwago nʼakwakulibwa nʼatwalibwa eri Katonda ku ntebe ye eyʼobwakabaka. Omukazi nʼaddukira mu ddungu eyali ekifo Katonda gye yategeka okumulabirira okumala ennaku Lukumi mu bibiri mu nkaaga.

Ka tusanyuke, tujaguze, era tumugulumize, kubanga ekiseera kituuse ekyʼembaga eyʼobugole eyʼOmwana gwʼEndiga, era nʼomugole we yeeteeseteese. Omugole nʼayambazibwa olugoye olwa linena omulungi ennyo, olunekaaneka era olusingayo okutukula.” (Linena omulungi ennyo bye bikolwa ebyʼobutuukirivu ebyʼabatukuvu.) Malayika nʼaŋŋamba nti, “Wandiika nti Balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo kyʼembaga eyʼobugole eyʼOmwana gwʼEndiga.” Nʼayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.”

Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ngʼomugole bwʼabeera ku mbaga eyʼobugole bwe, ngʼayonjereddwa bbaawe.

Awo omu ku bamalayika omusanvu abaali bamaze okuyiwa ebibya ebyalimu ebibonoobono omusanvu ebyʼenkomerero nʼajja nʼaŋŋamba nti, “Jjangu nkulage omugole wʼOmwana gwʼEndiga.”

Omwoyo nʼOmugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi agʼobulamu agʼobuwa.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net