25 – Ssente
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Ssente.
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Ssente.
“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje nʼobutalagge, nʼababbi kwe bayinza okubibbira. Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, nʼababbi gye batayinza kuyingira kububba. Kubanga obugagga bwo gye bubeera nʼomutima gwo gye gubeera.”
”Weewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bwʼamalibwa mu ekyo kyʼalina. Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu. Naye bwe tuba nʼemmere, nʼebyokwambala ebyo bitumalenga. Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego akʼokwegomba okwʼobusirusiru era okwʼakabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira. Kubanga okululunkanira ensimbi yʼensibuko yʼebibi byonna, era olwʼokululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.
”Yesu nʼamutunuulira ngʼagenda, nʼalyoka akyukira abayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Nga kizibu nnyo abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!” Kino ne kibeewuunyisa nnyo. Yesu nʼayongera nʼabagamba nti, “Abaana abaagalwa, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo yʼempiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” Ne beewuunya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Olwo kale ani ayinza okulokolebwa!” Yesu nʼabatunuulira enkaliriza nʼabagamba nti, “Eri abantu tekisoboka nʼakatono. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”
”Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini nʼalyoka aleeta ebibala byʼebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Katonda. Aberi naye nʼaleeta ku baana bʼendiga ze ababereberye nʼamasavu gaazo. Mukama nʼasiima Aberi nʼekiweebwayo kye. Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini nʼasunguwala nnyo, ne ndabika yʼamaaso ge nʼewaanyisibwa.
”Mu kiseera ekyo Ibulaamu yalina ente nnyingi, ne ffeeza ne zaabu nnyingi nnyo.
”ekitundu mwe baali nga tekibamala bombi. Obugagga bwabwe bwali bungi nnyo,
”Era Katonda Ali Waggulu Ennyo agulumizibwe agabudde abalabe bo mu mikono gyo.” Awo Ibulaamu nʼamuwa ekitundu ekyʼekkumi ekya buli kimu.
”Mukama yawa mukama wange emikisa mingi, era afuuse mukulu, amuwadde ebisibo byʼendiga nʼamagana gʼente, ne ffeeza ne zaabu, abaweereza abasajja nʼabaweereza abakazi era nʼeŋŋamira awamu nʼendogoyi.
”Nʼaggyayo ebyʼobugagga ebya ffeeza ne zaabu, nʼebyambalo nʼabiwa Lebbeeka, era nʼawa mwannyina ne nnyina ebirabo ebyʼomuwendo omungi.
”Isaaka nʼasigala mu nsi omwo, nʼafuna amakungula emirundi kikumi agʼebyo bye yasiga. Nʼafuuka mugagga, obugagga bwe ne bweyongera nʼagaggawala nnyo. Yalina ebisibo byʼendiga bingi nnyo nʼamagana gʼente, era nʼabaweereza nfaafa; Abafirisuuti ne bamukwatirwa obuggya.
”Era ejjinja lino lye nsimbye okuba empagi liriba nnyumba ya Katonda, era nʼebyo byonna byʼompa ndikuwaako ekimu ekyʼekkumi.”
”Yusufu nʼatereka emmere mpitirivu, nʼebanga omusenyu ogwʼoku nnyanja, okutuusa lwe yalekeraawo okugipima, nga tekisoboka kugipima.
”Kale enjala bwe yabuna Misiri, Yusufu nʼasumulula ebyagi byʼemmere byonna; nʼaguza Abamisiri emmere. Ensi zonna nazo ne zijja e Misiri eri Yusufu okugula emmere; kubanga enjala yayitirira mu nsi zonna.
”Yusufu nʼawa kitaawe ne baganda be nʼabʼennyumba ya kitaawe emmere ngʼomuwendo gwʼabaana baabwe bwe gwali.
”Awo emmere nʼeggwa mu kitundu ekyo kyonna kubanga enjala yayitirira obungi, ne kireetera ensi yʼe Misiri ne Kanani okukosebwa ennyo. Yusufu nʼakuŋŋaanya ensimbi zonna ezaali mu Misiri ne mu Kanani ngʼabaguza emmere; nʼazireeta mu lubiri lwa Falaawo. Awo ensimbi bwe zaggwa ku bantu bʼe Misiri ne Kanani ne bajja eri Yusufu ne bamugamba nti, “Tuwe emmere. Ensimbi zituweddeko. Lwaki tufa?” Yusufu nʼabagamba nti, “Kale obanga ensimbi zibaweddeko mundeetere ensolo zammwe mbaguze emmere.” Awo ne bamuleetera amagana gʼenssolo zaabwe, omwali embalaasi, nʼendiga, nʼente, nʼendogoyi, okubiwaanyisaamu emmere; emmere eyo nʼebayisa mu mwaka ogwo. Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bajja eri Yusufu mu mwaka ogwaddirira ne bamugamba nti, “Tetuukukise mukama waffe, ensimbi zituweddeko nʼensolo zaffe zifuuse zizo tewali kye tusigazza, wabula emibiri gyaffe gino nʼebyalo byaffe. Tufiira ki nga wʼoli? Tugule ffe nʼebyalo byaffe otuwe emmere tuleme okufa, naffe tuliba baddu ba Falaawo, ensi yaffe ereme okuzikirira.” Bwʼatyo Yusufu nʼagulira Falaawo ensi yonna eyʼe Misiri. Abamisiri kinoomu, bonna ne batunda ebyalo byabwe kubanga enjala yali mpitirivu, ensi yonna nʼefuuka ya Falaawo. Bwe batyo nʼabantu baamu okuva ku njuyi zonna ne bafuuka baddu ba Falaawo.
”Buli mukazi Omuyisirayiri alisaba omukazi Omumisiri muliraanwa we, nʼoyo bwe basula mu nju emu, ebitemagana ebya ffeeza nʼebya zaabu, nʼengoye ezʼokwambala. Ebyo byonna mulibyambaza batabani bammwe ne bawala bammwe; Abamisiri ne muleka nga mubakalizza.”
”Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Nzija kubatonnyeseza emmere ngʼeva mu ggulu. Abantu banaakuŋŋaanyanga buli lunaku ekitundu ekyʼolunaku olwo; ndyoke mbagezese ndabe obanga banaakwatanga amateeka gange, oba tebaagakwatenga. Ku lunaku olwʼomukaaga bwe banaabanga bakuŋŋaanya emmere eyʼolunaku olwo, bakuŋŋaanyanga eyenkanaankana nʼeyʼennaku bbiri.”
”Musa nʼabagamba nti, “Tewabaawo omuntu nʼomu agifissaako okutuusa enkeera.” Kyokka abamu Musa tebaamufaako; ne beeterekerako okutuusa enkeera; nʼezaala envunyu, era nʼewunya. Musa nʼabasunguwalira.
”“Tobbanga.”
”“Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omulenzi, newaakubadde omuweereza we omuwala, wadde ente ye oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
”Temwekoleranga bakatonda balala wendi; temwekoleranga bakatonda ba ffeeza oba bakatonda ba zaabu.’ ”
”“Oyo awambanga omuntu nʼamutunda oba nʼakwatibwa naye nga tannamutunda attibwanga buttibwa.”
”“Omuntu bwʼanaateresanga munne ensimbi oba ebintu bye ebirala, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bwʼanaakwatibwanga anaaliwanga emirundi ebiri. Naye omubbi bwʼataakwatibwenga, nannyini nnyumba ateekwa agende eri abalamuzi, basalewo obanga ebintu bya munne ye yabitutte.
”“Bwʼowolanga ensimbi omu ku bantu bange abali mu mmwe, ngʼali mu kwetaaga, teweeyisanga ngʼabawozi bʼensimbi abalala; tomusasuzanga magoba.
”“Gamba abaana ba Isirayiri bandeetere ekiweebwayo. Buli muntu aleete ekiweebwayo ngʼokuteesa kwʼomutima gwe bwe kuli, okimunzijireko.
”Mutoole ku bye mulina muweeyo eri Mukama. Buli omu aweeyo, nga bwʼayagala mu mutima gwe ebiweebwayo eri Mukama: zaabu, ffeeza nʼekikomo;
”Abasajja nʼabakazi bonna abaayagala mu mitima gyabwe ne bajja; ne baleeta ebikwaso ebyʼomuwendo, empeta ezʼomu matu, nʼempeta ezʼoku ngalo, nʼebikomo, nʼebirala ebya zaabu ebitali bimu; buli muntu nʼawaayo ekirabo ekya zaabu eri Mukama.
”ne bajja eri Musa ne bamugamba nti, “Ebirabo abantu bye baleese bisukkiridde obungi ku ebyo ebyetaagibwa okumala omulimu Mukama gwe yalagira okukolebwa.” Awo Musa nʼawa ekiragiro ne kibunyisibwa mu lusiisira lwonna nti, “Tewabaawo musajja oba mukazi ayongera okuleeta ekiweebwayo olwʼomulimu gwʼEweema ya Mukama.” Bwe batyo abantu ne bagaanibwa okwongera okuwaayo; kubanga ebyo abakozi bye baalina byali bimala omulimu ogwo era nʼokufikkawo.
”“Omuntu bwʼanaayonoonanga nʼamenya obwesigwa eri Mukama olwʼokulimbalimba munne ku kye yamuteresa, oba kye yamukwasa, oba omuntu oyo kye yabba; oba bwʼanabbiranga munne, oba bwʼanaazuulanga ebyali bibuze naye nʼalimba; oba bwʼanaalayiranga ebyʼobulimba, oba bwʼanaayonoonanga mu bintu ngʼebyo byonna abantu mwe batera okwonoona,
”“Bwʼokungulanga ekyengera ekyʼomu ttaka lyo, tokunguliranga ddala ebibala byonna ebyʼomu nnimiro yo okutuuka ku nkomerero zaayo, oba okukuŋŋaanya obubala obutonotono obunaabanga bugudde wansi ngʼokungula. Ennimiro yo eyʼemizabbibu togimalirangamu ddala bibala byonna, nʼebyo ebibanga bigudde wansi tobikuŋŋaanyanga. Obirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe. “Tobbanga, era tokumpanyanga, era temulimbagananga.
”“Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye. Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo nʼomala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula.
”“Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bwʼebintu. Mubanga ne minzaani entuufu, nʼamayinja agapima obuzito amatuufu, nʼekipima ebikalu (efa) ekituufu, nʼekipima ebiyiikayiika ngʼamazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi yʼe Misiri.
”“Bwe munaakungulanga emmere mu ttaka lyammwe temugimalirangamu ddala okutuuka ku mbibiro zʼennimiro yammwe, wadde okukuŋŋaanyanga eneebanga ekunkumuse wansi nga mumaze okukungula. Eyo mugirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.”
”Okumala emyaka mukaaga ennimiro zammwe munaazisigangamu emmere, era mu myaka egyo omukaaga munaasaliranga emizabbibu gyammwe nʼebibala ne mubikungula. Naye mu mwaka ogwʼomusanvu ettaka lyʼensi eyo linaabanga ne ssabbiiti eyʼokuwummula eri Mukama Katonda. Temusiganga mmere mu nnimiro zammwe wadde okusalira emizabbibu gyammwe. Ebimera ebyekuzizza byokka, ebimererezi, temubikungulanga wadde okunoga ebibala ku mizabbibu gyammwe egitaasalirwa. Omwaka ogwo ettaka lyʼensi linaaguwummulanga.
”“Munaabaliriranga essabbiiti musanvu ezʼomu myaka, kwe kugamba nti Musanvu emirundi emyaka musanvu. Bwe kityo ekiseera kyonna ekya ssabbiiti ezo ne kiba emyaka amakumi ana mu mwenda. Ekkondeere eryʼokujaguza munaalifuuyiranga wonna wonna ku lunaku olwʼekkumi mu mwezi ogwʼomusanvu ku Lunaku olwʼOkutangiririrwa, ekkondeere munaalifuuyiranga mu nsi yammwe yonna. Munaatukuzanga omwaka ogwʼamakumi ataano, era munaalangiriranga ebiseera ebyʼeddembe eri abatuuze bonna mu ggwanga lyammwe. Omwaka ogwo gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; buli omu anaddangayo mu kifo kye ekyʼobwannannyini, era buli omu anaddangayo mu kika kye. Omwaka ogwʼamakumi ataano gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; mu mwaka ogwo temuusigenga era temuukungulenga bikuze ku bimererezi newaakubadde okukuŋŋaanya ebibala ebyʼoku mizabbibu egitali misalire. Kubanga ekiseera ekyo kya kujaguza kya Jjubiri era kinaabanga kitukuvu gye muli; mulyenga ebyo byokka bye munaggyanga mu nnimiro.
”“Munnansi munnammwe bwʼanaayavuwalanga ngʼali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe.
”Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bwʼatyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe. Bwʼomuwolanga ensimbi azzengawo omuwendo gwennyini gwʼomuwoze so tasukkirizangamu. Era bwʼomuguzanga emmere tossangamu magoba.
”“Buli kitundu ekyʼekkumi ekiva mu nsi, gamba ku mmere eyʼempeke eva mu ttaka, oba ku bibala ebiva ku miti, kya Mukama Katonda, era kitukuvu eri Mukama Katonda.
”Awo Mukama Katonda nʼagamba Alooni nti, “Toobenga na byabusika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo; Nze mugabo gwo era Nze busika bwo mu baana ba Isirayiri. “Ebitundu ebyʼekkumi byonna abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga, mbiwadde Abaleevi okubeeranga omugabo gwabwe nga ye mpeera yaabwe olwʼomulimu gwe bakola nga baweereza mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.
”Mukama Katonda nʼagamba Musa nti, “Yogera nʼAbaleevi obagambe nti, ‘Bwe munaafunanga ebitundu ebyʼekkumi, bye mbawadde ngʼomugabo gwammwe, nga mubiggya ku baana ba Isirayiri, munaggyangako ekitundu ekyʼekkumi ne mukireeta nga kye kiweebwayo kyammwe eri Mukama Katonda. Ekiweebwayo kyammwe kinaabalibwanga ngʼemmere yʼempeke eyʼomu gguuliro oba ngʼomubisi ogwʼomu ssogolero. Mu ngeri eyo nammwe munaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga mukiggya ku bitundu ebyʼekkumi bye munaafunanga ku baana ba Isirayiri. Ku bitundu ebyo ebyʼekkumi kwe munaggyanga ekiweebwayo kya Mukama ne mukikwasa Alooni kabona. Mu birabo ebyo byonna bye banaabawanga munaggyangako ekisingira ddala obulungi era ekitukuvu ennyo ne mukireeta nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda.
”Lwaki erinnya lya kitaffe mu kika linaabulamu olwʼobutazaala mwana wabulenzi? Mutuwe omugabo mu baganda ba kitaffe.” Musa nʼaleeta ensonga zaabwe awali Mukama Katonda. Mukama nʼagamba Musa nti, “Abawala ba Zerofekadi kye bagamba kituufu; bafunire omugabo ogwʼobutaka awamu ne baganda ba kitaabwe, era nʼomugabo gwa kitaabwe gubaweebwe. “Era gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Omusajja bwʼanaafanga nga taleseewo mwana wabulenzi, kale omugabo gwe ogwʼobusika bwe gunaaweebwanga omwana we omuwala. Bwʼataabenga na mwana wabuwala, omugabo gwe onooguwanga baganda be. Bwʼanaabanga talina baganda be, omugabo gwe onooguwanga baganda ba kitaawe. Kitaawe bwʼaba nga teyalina baganda be, omugabo gwe onooguwanga owooluganda asinga okuba owʼokumpi mu kika kye, oyo yʼanaagutwalanga. Eryo linaabanga tteeka erinaakwatibwanga abaana ba Isirayiri, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.’ ”
”Noolwekyo tuleetedde Mukama Katonda ekiweebwayo nga kya bintu ebya zaabu buli omu ku ffe bye yanyaga; mwe muli ebikomo ebyʼoku mikono, emikuufu egyʼoku magulu, empeta zʼoku ngalo nʼempeta ezʼomu matu nʼobutiiti obwʼomu bulago, twetangiririre mu maaso ga Mukama Katonda.”
”Noolwekyo tewaabengawo butaka obwʼobusika obuggyibwa mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala; kubanga buli kika ekyʼabaana ba Isirayiri kinaakuumanga butiribiri obutaka bwʼobusika obwʼekika ekyo.”
”“Tobbanga.”
”“Teweegombanga mukyala wa muntu munno. So teweegombanga nnyumba ya muntu munno, newaakubadde ennimiro ye, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
”ensi, emmere gyʼeteebeerenga ya bbula, nga buli kyʼoneetaaganga onookifunanga; ensi, ngʼebyuma ge mayinja gaayo, era gyʼonoosimanga ekikomo mu nsozi zaayo.
”Si kulwa ngʼonoolyanga nʼokkuta, ne weezimbiranga amayumba amalungi, nʼotereera; amagana go nʼebisibo byo nga bigezze, ne zaabu yo ne ffeeza yo nga byaze, nga ne buli kintu kyʼonoobanga nakyo nga kyeyongedde okwala, kale olwo omutima gwo ne gujjangamu amalala, ne weerabiranga Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi eyʼe Misiri mu nnyumba eyʼobuddu. Eyakukulemberanga nʼakuyisanga mu ddungu eddene era ezzibu ennyo eritiisa, ekkalu omutali tuzzi, nga libunye emisota emikambwe egyʼobusagwa, nʼenjaba. Eyakuggyira amazzi mu lwazi. Yakuliisanga emmaanu mu ddungu, emmere bajjajjaabo gye baali batalabangako. Yali ngʼakwetoowazisa era nga bwʼakugezesa, ku nkomerero biryoke bikugendere bulungi. Weekuumenga, olemenga okulowoozanga mu mutima gwo nti, ‘Obugagga buno bwonna mbufunye olwʼobuyinza bwange nʼamaanyi gʼemikono gyange.’ Naye ojjukiranga Mukama Katonda wo, kubanga yʼakuwa obuyinza okufuna obugagga, alyoke atuukirize endagaano ye gye yalayirira bajjajjaabo, nga bwe kiri leero.”
”Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wʼabakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi. Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ngʼabawa emmere nʼebyokwambala.
”awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, nʼebitundu byammwe ebyʼekkumi, nʼebirabo ebyʼenjawulo, nʼobweyamo bwammwe, nʼebiweebwayo ebya kyeyagalire, nʼebibereberye ebyʼomu bisibo byammwe nʼebyʼomu biraalo byammwe.
”kale nno, mu kifo ekyo Mukama Katonda wammwe kyanaabanga yeerondedde okutuuzanga omwo Erinnya lye, omwo mwe munaaleetanga buli kintu kyonna kye mbalagira: ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, nʼebiweebwayo ebirala, nʼebitundu byammwe ebyʼekkumi, nʼebirabo ebyʼenjawulo, nʼebirabo ebisinga obulungi mu bintu byammwe bye munaabanga mweyamye okuwaayo eri Mukama.
”Mu bibuga byo toliirangamu kitundu ekimu ekyʼekkumi ekyʼemmere yo eyʼempeke, oba ekya wayini wo, oba ekyʼamafuta go; oba ebibereberye ebyʼomu bisibo byo nʼebyʼomu biraalo byo, oba nʼobweyamo bwo oba nʼebiweebwayo ebya kyeyagalire; wadde nʼebirabo ebitali bya bulijjo.
”Buli lwʼonookungulanga ebibala byo nga biva mu nnimiro yo buli mwaka, weegenderezanga nʼossangako wabbali ekitundu kyabyo ekyʼekkumi. Onoolyanga ekitundu ekyʼekkumi ekyʼemmere yʼempeke, nʼekya wayini omusu, nʼekyʼamafuta, nʼekyʼebibereberye ebyʼebisibo byo nʼebyʼamagana go. Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo kyʼanaabanga yeerondedde ekyʼokubeerangamu Erinnya lye, olyokenga oyige okutyanga Mukama Katonda wo bulijjo.
”Ku buli nkomerero yʼomwaka ogwʼomusanvu, amabanja gonna onoogasonyiwanga. Okusonyiwa okwo kunaabeeranga bwe kuti: buli muntu eyawola munne ebbanja, anaasazangamu ebbanja eryo lye yamuwola. Temubanjanga Bayisirayiri bannammwe, kubanga ebiro Mukama byʼanaabanga ataddewo ebyʼokusonyiwagana amabanja binaabanga bimaze okulangirirwa. Onooyinzanga okubanja munnaggwanga akusasule, naye ebbanja muganda wo lyʼakulinako onoolimusonyiwanga.
”Kubanga Mukama Katonda wo agenda kukuyiwako emikisa gye nga bwe yakusuubiza. Amawanga mangi onoogawolanga naye ggwe tojjanga kugeewolako. Onoofuganga amawanga mangi, naye go tegaakufugenga.
”Bwʼonoobanga oli mu bibuga byo mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa, mu mmwe bwe munaabangamu munno omwavu ali mu kwetaaga tokakanyazanga mutima gwo wadde okukodowaliranga muganda wo oyo omwavu. Omwanjululizanga engalo zo, nʼomuwolanga nʼokwagala kyonna kyʼanaabanga yeetaaga okumuwewulako obuzibu bwe.
”Weekuumenga nnyo olemenga kubeeranga na ndowooza eno embi mu mutima gwo nti, “Omwaka ogwʼomusanvu ogwʼokusonyiwa amabanja gusembedde,” muganda wo nʼomukwatirwa ettima nʼotobaako kyʼomuwa. Muganda wo ayinza okujulira eri Mukama nʼosangibwanga ngʼogudde mu kibi. Muwenga nʼokwagala nʼobutajuliriranga, kubanga olwʼomwoyo ngʼogwo, Mukama Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu kyʼonootuusangako engalo zo. Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti Muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.
”Kale nno onookwatanga Embaga ya Wiiki ezo ngʼoleetera Mukama Katonda wo ekiweebwayo ekya kyeyagalire ekinaavanga mu ngalo zo, ngʼemikisa bwe ginaabeeranga Mukama Katonda wo gyʼanaabanga akuwadde.
”Buli omu anaaleetanga ekirabo kye ngʼobusobozi bwe bwe bunaabanga, nga bwesigamizibwa ku mikisa Mukama Katonda wo gyʼanaabanga akuwadde.
”Tawasanga bakazi bangi kubanga bagenda kumukyamyanga. So tekimugwanira kwetuumangako zaabu nʼeffeeza ennyingi ennyo.
”Tebaabeerenga na mugabo gwa busika nga bannaabwe abalala bonna mu Isirayiri, kubanga Mukama Katonda yabasuubiza nga yʼanaabanga obusika bwabwe.
”Tosimbulanga bituuti ebiri mu mpenda eziraga ensalo ya buli muntu ne muliraanwa we, ebyasimbibwawo abʼomu mirembe egyasooka, ebiraga ettaka lyʼonoogabana mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa okugirya.
”“Omuyisirayiri bwʼanaawolanga Muyisirayiri munne ensimbi, oba emmere, oba ebintu ebirala byonna, bwʼanaabanga asasulwa tasabirangako magoba gaabyo. Bwʼonoowolanga bannaggwanga onoobasabirangako amagoba gaako; Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa ku buli kyʼonookwatangako engalo ngʼotuuse mu nsi gyʼoli okumpi okuyingira nʼokugyefunira.
”Omuntu bwʼanaakwatibwanga ngʼawamba, obanga atunda Omuyisirayiri munne mu buddu, kale omuwambi anattibwanga. Bwʼotyo bwʼonoomalangamu ekibi wakati mu mmwe.
”Bwʼonookungulanga emizabbibu okuva mu nnimiro yo, toddangamu mulundi gwakubiri. Ebibala ebinaabanga bisigaddeko onoobirekeranga bannamawanga, ne bamulekwa ne bannamwandu.
”Yatuleeta mu kifo kino nʼatuwa ensi eno, ensi omukulukutira amata nʼomubisi gwʼenjuki. Bwe ntyo ndeese gyʼoli ebibala ebibereberye ebiva mu ttaka eryʼomu nsi gyʼompadde, Ayi Mukama.” Olibiteeka mu maaso ga Mukama Katonda wo nʼovuunama mu maaso ge. Kale nno, ggwe awamu nʼAbaleevi, ne bannamawanga abanaabeeranga mu mmwe, onoojaguzanga ngʼosanyukira ebirungi byonna, Mukama Katonda wo byʼanaabanga akuwadde ggwe nʼamaka go gonna.
”Mu mwaka ogwokusatu bwʼonoomalanga okuggyako ku makungula go ekitundu ekyʼekkumi nʼokissa wabbali, kubanga ogwo gwe mwaka ogwʼekitundu ekyʼekkumi, onoddiranga ekitundu ekyo nʼokiwa Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, ne baliiranga mu bibuga byo ne bakkuta. Awo onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Ekitundu ekimu ekyʼekkumi ekyatukuzibwa nkiggyayo mu maka gange ne nkigabira Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nga byonna bye wandagira bwe biri. Sikyamyeko kuva ku biragiro byo newaakubadde okwerabira nʼekimu ku byo.
”Mukama anaakugaggawazanga nnyo mu byonna: mu zadde eryʼenda yo, ne mu baana abʼebisibo byo byʼonoolundanga, ne mu bibala ebyʼomu ttaka lyo, ngʼoli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa. Mukama alikuggulirawo eggwanika lye eryʼobugagga bwe eryʼeggulu, nʼatonnyesanga enkuba mu ttaka lyo, mu biseera byayo, ne buli kintu kyonna kyʼonookolanga anaakiwanga omukisa. Onoowolanga amawanga mangi, kyokka ggwe toogeewolengako nʼakatono.
”Kyokka ffeeza ne zaabu nʼebintu byonna ebyʼekikomo nʼebyʼekyuma bitukuvu eri Mukama era byakutereka mu ggwanika lya Mukama.”
”Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa mugabo. Mukama Katonda wa Isirayiri, ye mugabo gwabwe gwe yabawa, nga Mukama bwe yabagamba.
”Mukama Katonda yʼayavuwaza era yʼagaggawaza; atoowaza ate nʼagulumiza. Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu; asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu yʼevvu; nʼabatuuza nʼabalangira, era ne basikira entebe eyʼekitiibwa. Kubanga emisingi gyʼensi gya Mukama Katonda, era okwo kwʼatuuzizza ensi.
”Awo Mukama nʼatuma Nasani eri Dawudi amugambe nti, “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga ekimu, omu nga mugagga, omulala nga mwavu. Omugagga yalina ebisibo byʼendiga bingi nʼente nnyingi; naye omwavu nga taliiko bwʼali wabula yalina omwana gwʼendiga gumu nga muluusi gwe yagula. Nʼalabirira omwana gwʼendiga ogwo, ne gukula nʼabaana be, ne gugabananga ku mmere ye, ne gunyweranga wamu naye, era nʼaguleranga. Gwali ngʼomwana we owoobuwala gyʼali. “Lwali lumu ne wajja omutambuze eri nnaggagga, naye nnaggagga oyo nʼatayagala kuddira emu ku ndiga ze oba nte ze okuteekerateekera omutambuze oyo ekyokulya. Kyeyava addira omwana gwʼendiga guli ogwʼomwavu nʼaguteekerateekera omugenyi we.” Awo Dawudi nʼasunguwalira nnyo omusajja nnaggagga, nʼayogera nti, “Mukama nga bwʼali omulamu, omusajja akoze ekintu bwe kityo ateekwa okusasula emirundi ena olwʼekikolwa ekyo, kubanga talina kusaasira, era asaanira attibwe.”
”Naye kabaka nʼagamba Alawuna nti, “Nedda, nzija kulisasulira. Sijja kuwaayo ssaddaaka ezʼebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.” Awo Dawudi nʼasasulira egguuliro nʼente, omuwendo ogwʼenkana effeeza, gulaamu lukaaga. Dawudi nʼazimbira Mukama ekyoto nʼawaayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo olwʼemirembe. Olwo Mukama Katonda nʼayanukula okusaba kwe ku lwʼensi, kawumpuli nʼava ku Isirayiri.
”Sulemaani nʼasabika munda wa yeekaalu ne zaabu ennongoose, nʼayongerako nʼenjegere eza zaabu mu maaso gʼomu kisenge ekyʼomunda ekyali kibikiddwako zaabu. Munda wa yeekaalu mwonna, nʼassaamu zaabu, ne ku kyoto ekyʼomu kisenge awaayimirirwanga okwogera nʼasiigako zaabu.
”Ne wansi mu bisenge ebyʼomunda nʼebyʼebweru ebya yeekaalu nʼassaamu zaabu.
”Awo Sulemaani nʼakozesa nʼebintu ebirala byonna ebyateekebwa mu yeekaalu ya Mukama: ekyoto ekya zaabu; emmeeza eya zaabu okwaberanga emigaati egyʼokulaga; ebikondo byʼettaala ebya zaabu ennongoose, bitaano ku luuyi olwa ddyo nʼebitaano ku luuyi olwa kkono, byonna awamu kkumi, mu kifo awaayimirirwanga okwogera; obusumbi bwʼebimuli; ettabaaza ne makansi nga bya zaabu; bbensani, ne makansi ezisala ebisirinza, ne bbakuli ezifukirira, nʼebibya ne fulampeni, nga bya zaabu ennongoose; eminyolo gyʼenzigi egyʼekisenge ekyʼomunda ddala, kye Kifo Ekitukuvu Ennyo nga gya zaabu, nʼegyʼenzigi ezʼekisenge ekinene ddala ekya yeekaalu nga gya zaabu.
”Obuzito obwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwali ttani amakumi abiri mu ssatu,
”Ebikompe byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, ne byonna ebyali mu lubiri lwe olwakolebwa mu kibira kya Lebanooni. Tewali kyakolebwa mu ffeeza, kubanga ffeeza teyali ya muwendo nnyo mu biro ebyo. Kabaka yalina ebyombo ebya maguzi ku nnyanja ebyakozesebwanga awamu nʼebya Kiramu, ebyaleetanga zaabu, ne ffeeza, nʼamasanga, nʼenkobe nʼenkima eza buli ngeri omulundi gumu mu buli myaka esatu. Kabaka Sulemaani yalina obugagga bungi nnyo nnyini, nʼamagezi mangi nnyo okusinga bakabaka abalala bonna ku nsi.
”Bwe yali ngʼagenda okugakima, Eriya nʼamukoowoola ngʼagamba nti, “Nkwegayiridde, ndeeteraayo nʼomugaati.” Nʼaddamu nti, “Mukama nga bwʼali omulamu, sirina mugaati okuggyako olubatu lwʼobutta mu kibya nʼotufuta mu kasumbi, era kaakano nkuŋŋaanya buku mbutwale eka neefumbire nze nʼomwana wange tubulye tufe.” Eriya nʼamugamba nti, “Totya. Genda eka okole nga bwʼogambye. Naye sooka onfumbire akagaati, okuva mu byʼolina okandeteere, oluvannyuma weefumbire ggwe nʼomwana wo. Kubanga kino Mukama Katonda wa Isirayiri kyʼagamba nti, ‘Ekibya kyʼobutta tekiriggwaamu, so nʼakasumbi kʼamafuta tekalikalira okutuusa olunaku Mukama lwʼalitonyesa enkuba ku nsi.’ ” Nʼagenda nʼakola nga Eriya bwe yamugamba, era ne waba emmere bulijjo eya Eriya ne nnamwandu nʼamaka ge. Ekibya kyʼobutta tekyakendeera wadde akasumbi kʼamafuta okukalira, ngʼekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Eriya bwe kyali.
”Erisa nʼamuddamu nti, “Oyagala nkuyambe ntya? Ntegeeza, olina ki mu nnyumba?” Nʼamugamba nti, “Omuweereza wo kyʼalinawo kyokka mu nnyumba twe tufuta otutono ennyo.” Erisa nʼamugamba nti, “Genda mu baliraanwa bo bonna obeeyazikeko ebintu ebyereere, nga bingi ddala. Oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ggwe ne batabani bo, ottululire amafuta mu bintu ebyo byonna, ngʼekijjula kyʼossa wa bbali.” Bwe yava waali nʼaddayo eka ne yeggalira mu nnyumba ye nʼabaana be. Ne bamuleetera ebita nga ye bwʼattulula. Ebintu byonna ebyali awo bwe byajjula, nʼagamba omu ku batabani be nti, “Ndeetera ekintu ekirala.” Naye nʼamuddamu nti, “Biweddeyo.” Awo amafuta ne gakoma. Amangwago nnamwandu nʼaddayo ewʼomusajja wa Katonda. Omusajja wa Katonda nʼamugamba nti, “Genda otunde amafuta ago, osasule amabanja go, ebinaafikkawo bikuliisenga ggwe ne batabani bo.”
”Keezeekiya nʼamuwa ffeeza yonna eyali mu yeekaalu ya Mukama nʼeyo eyali mu mawanika agʼomu lubiri. Mu kiseera ekyo Keezeekiya kabaka wa Yuda nʼaggyako zaabu gwe yali atadde ku nzigi ne ku minyolo egya yeekaalu ya Mukama, nʼamuwa kabaka wʼe Bwasuli.
”Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza nʼatwala ebyʼobugagga byonna okuva mu yeekaalu ya Mukama, nʼokuva mu lubiri lwa kabaka, era nʼatemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ngʼabitadde mu yeekaalu ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira. Nʼatwala Yerusaalemi kyonna, nʼabakungu bonna, nʼabasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna nʼabaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ngʼomutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.
”Yabezi nʼakoowoola Katonda wa Isirayiri ngʼagamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda nʼaddamu okusaba kwe.
”Ate era waaliyo ne baliraanwa baabwe abʼe Isakaali, ne Zebbulooni, ne Nafutaali abaabaleeteranga emmere ku ndogoyi, ne ku ŋŋamira, ne ku nnyumbu ne ku nte, era baalina eŋŋaano nnyingi, ne keeke ezʼettiini, nʼebirimba ebyʼezabbibu, nʼomwenge, nʼamafuta, nʼente nʼendiga. Baasanyuka essanyu lingi nnyo nnyini mu Isirayiri.
”“Mu kutegana okungi ntegekedde yeekaalu ya Mukama ttani eza zaabu enkumi ssatu mu bina mu ataano, ne ttani eza ffeeza emitwalo esatu mu enkumi nnya mu bitaano; nʼebikomo nʼebyuma bingi nnyo ebitapimika muwendo gwabyo, nʼembaawo nʼamayinja. Ate okyayinza nʼokwongerako.
”Ntegese olwa yeekaalu ya Katonda wange, zaabu olwʼomulimu gwa zaabu, ne ffeeza olwʼomulimu gwa ffeeza, nʼebikomo olwʼomulimu ogwʼebikomo, nʼebyuma olwʼomulimu ogwʼebyuma, nʼembaawo olwʼomulimu ogwʼembaawo, amayinja aga onuku mangi nʼamayinja agʼokutona, amayinja agʼomulimu ogwʼenjola nʼagʼamabala mangi, nʼamayinja agʼomuwendo omungi agʼengeri zonna, nʼamayinja amanyirivu mangi nnyo. Okwongera kwʼebyo byonna, nʼokwewaayo kwange olwa yeekaalu ya Katonda wange, mpaddeyo amawanika gange aga zaabu ne ffeeza ku lwa yeekaalu ya Katonda wange;
”Ne bawaayo zaabu ttani kikumi mu kyenda ne kilo kinaana mu nnya, ne ffeeza ttani bisatu mu nsanvu mu ttaano, nʼebikomo ttani lukaaga mu nsanvu mu ttaano, nʼebyuma ttani enkumi ssatu mu lusanvu mu ataano, olwʼomulimu gwa yeekaalu ya Katonda. Abo abaalina amayinja agʼomuwendo, baagawaayo eri eggwanika lya yeekaalu ya Mukama, eyakuumibwanga Yekyeri Omugerusoni. Abantu ne basanyukira nnyo okwewaayo abakulembeze baabwe kwe beewaayo, kubanga baawaayo nʼomutima ogutuukiridde eri Mukama. Ne kabaka Dawudi nʼasanyuka nnyo nnyini.
”Obugagga nʼekitiibwa biva gyʼoli, era ggwe ofuga ebintu byonna; omukono gwo gwʼamaanyi era gwa buyinza era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.
”“Naye nze ani nʼabantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gyʼoli, era tukuwadde ku bibyo.
”Era Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tuwaddeyo olwʼokuzimba eyeekaalu ku lwʼerinnya lyo, biva gyʼoli, era byonna bibyo.
”Katonda nʼaddamu Sulemaani nti, “Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, nʼotosaba bintu, oba obugagga, wadde ekitiibwa newaakubadde okuwangula abalabe bo, ate nʼotosaba na buwangaazi, naye nʼosaba amagezi nʼokumanya osobole okufuga abantu bange, ggwe, nga kabaka waabwe, amagezi nʼokumanya bikuweereddwa. Era nzija kukuwa obugagga, nʼebintu, nʼekitiibwa, ebitenkana ebyo bakabaka abaakusooka bye baalina, wadde abalijja ngʼovuddewo, bye balifuna.”
”Kabaka nʼafuula effeeza ne zaabu okuba ebyabulijjo mu Yerusaalemi, nga bingi ngʼamayinja; era nʼafuula nʼemivule okuba emingi ngʼemisukamooli mu nsenyi.
”Nʼalagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo nga bwe kyali kibagwanira eri bakabona nʼAbaleevi, nabo beeweerengayo ddala nga bwe kyalagirwa mu tteeka lya Mukama. Awo ekiragiro ekyo bwe kyabuna wonna, amangwago Abayisirayiri ne bawaayo ku bibala byabwe ebibereberye bingi ebyʼeŋŋaano, nʼebya wayini omusu, nʼebyʼamafuta, nʼebyʼomubisi gwʼenjuki ne ku ebyo byonna ebyava mu nnimiro. Ne baleeta bingi nnyo, ekitundu ekyʼekkumi ku buli kintu.
”Awo ekibinja kyʼabasajja ne bakazi baabwe ne bakaayana nnyo olwa baganda baabwe Abayudaaya. Abamu ku bo ne boogera nti, “Ffe, ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi nnyo, tulina okufuna eŋŋaano eyʼokulya okutubeezaawo nga tuli balamu.” Abamu ne boogera nti, “Twasingawo ebibanja byaffe, nʼennimiro zaffe ezʼemizabbibu nʼamaka gaffe tuleme okufa enjala mu kyeya.” Nʼabalala ne boogera nti, “Twewola sente okusobola okusasula omusolo gwa kabaka ku bibanja byaffe ne ku nnimiro zaffe ezʼemizabbibu. Newaakubadde nga tuli omusaayi gumu ne baganda baffe, nʼabaana baffe baana baabwe, kyatuleetera okuwaliriza batabani baffe ne bawala baffe okubawaayo mu buddu. Abamu ku bawala baffe twali twabawaayo dda mu busibe; kaakano tetusobola kununula bibanja byaffe ebyo kubanga abantu abalala baabitwala awamu nʼennimiro zaffe ezʼemizabbibu.” Bwe nawulira okukaaba kwabwe nʼebigambo ebyo ne nsunguwala nnyo. Ne mbirowoozaako, ne nnenya abakungu nʼabafuzi. Ne mbagamba nti, “Muggya omusolo ku baganda bammwe ne mukola amagoba!” Kyennava mpita olukuŋŋaana olunene okugonjoola ensonga ezo, ne mbagamba nti, “Twakola kye tusobola okununula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannamawanga, naye mmwe mutunda baganda bammwe, ffe ne tubagula okuva ku be mubaguzizza!” Ne basiriikirira, kubanga tebaalina kyakuddamu. Ne nyongera okubagamba nti, “Kye mukola si kirungi. Tekibagwanidde okutambula nga mutya Katonda waffe, okwewala okuswala mu maaso gʼabalabe baffe, bannamawanga? Nze, baganda bange ne basajja bange, tuwola abantu ensimbi nʼemmere eyʼempeke, naye ekigambo kyʼokuggya omusolo ku bantu nga kuliko amagoba kikome. Mubaddize leero ebibanja byabwe, nʼennimiro zaabwe ezʼemizabbibu, nʼezʼemizeeyituuni, nʼennyumba zaabwe, ne ku misolo gye mu bawooza, mubaddize kimu kya kikumi ku nsimbi, ne ku mmere eyʼempeke ne ku wayini omuggya ne ku mafuta.” Awo ne baddamu nti, “Tulibibaddiza, so tetuliddayo kubasaba kintu kyonna. Tunaakola nga bwʼolagidde.” Kyennava mpita bakabona ne ndayiza abakungu nʼabakulembeze okukola ebyo bye baasuubiza. Ne nkunkumula ne nsawo ezʼekyambalo kyange ne njogera nti, “Mukama Katonda akole bwʼatyo ennyumba yʼomuntu oyo, nʼebyʼobugagga bwe abimuggyeko, ataakole nga bwʼasuubizza. Omuntu oyo akunkumulibwe bwʼatyo aleme okusigaza ekintu!” Olukuŋŋaana lwonna ne baddamu nti, “Amiina, era Mukama yeebazibwe.” Abantu ne bakola nga bwe baasuubiza.
”“Ffe bakabona, nʼAbaleevi, nʼabantu twekubidde obululu okumanya ebiseera ennyumba zaffe mwe zinaaleeteranga enku mu nnyumba ya Katonda waffe, okwakanga mu kyoto kya Mukama Katonda waffe nga kyaka buli mwaka, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka.” “Ate era tutwala obuvunaanyizibwa okulaba nga buli mwaka tuleeta mu nnyumba ya Mukama ebibala ebisooka ku bisimbe byaffe ne ku buli muti ogubala ebibala.” “Era nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, tunaaletanga abaana aboobulenzi ababereberye, nʼennyana ennume ezisooka ezʼente zaffe, nʼennyana zʼamagana gaffe, nʼezʼebisibo byaffe, eri bakabona abaweerereza mu nnyumba ya Katonda waffe.” “Tunaaleetanga mu mawanika gʼennyumba ya Katonda waffe, eri bakabona, ekitole ekibereberye ku mmere gye tunaabanga tugoyezza, ne ku biweebwayo byaffe, ne ku bibala ebya buli muti gwaffe ebiriibwa, ne ku wayini waffe, ne ku mafuta. Ate era tunaaleeteranga Abaleevi ekimu ekyʼekkumi ku bimera byaffe, kubanga Abaleevi be bakuŋŋaanya ebitundu ebyʼekkumi mu byalo byaffe byonna gye tulimira. Kabona, owʼomu lulyo lwa Alooni, yanaawerekeranga abaleevi, bwe banaabanga bagenze okukima ebitundu ebyʼekkumi, era Abaleevi banaaleetanga kimu kya kkumi ku bitundu ebyʼekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge, mu mawanika. Abantu ba Isirayiri okwo nga kwʼotadde nʼAbaleevi, banaaleetanga ebirabo byabwe ebyʼemmere eyʼempeke, ne wayini omuggya, nʼomuzigo mu mawanika, ebintu ebyʼomu kifo ekitukuvu gye biterekebwa, era bakabona abaweereza, nʼabakuuma wankaaki nʼabayimbi gye babeera.” “Tetuulagajjalirenga nnyumba ya Katonda waffe.”
”Eriyasibu yali awadde Tobiya ekimu ku bisenge ebigazi omwali muterekebwa ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke, nʼomugavu, nʼebintu ebikozesebwa mu kusinza, ne kimu kya kkumi ekyʼemmere eyʼempeke, ne wayini omuggya, awamu nʼomuzigo ogwaweebwanga Abaleevi, nʼabayimbi, nʼabakuumi ba wankaaki, nʼebyo ebyaweebwanga bakabona.
”Yuda yenna ne baleeta ekimu ekyʼekkumi ekyʼemmere eyʼempeke ne wayini omuggya nʼomuzigo, ne babiteeka mu mawanika.
”Mu byobugagga ebingi ennyo bye yalina; mwe mwali endiga kasanvu, eŋŋamira enkumi ssatu, emigogo gyʼente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi enkazi ebikumi bitaano, nʼabaddu bangi nnyo nnyini; yali mwatiikirivu okusinga abantu abalala bonna mu nsi zʼebuvanjuba. Batabani be baakwatanga embaga zʼamazaalibwa gaabwe buli omu mu mpalo ngʼennaku zaabwe bwe zaali ziddiriŋŋananga mu maka ga buli omu; era baayitanga bannyinaabwe bonsatule okubajagulizaangako.
”nʼagamba nti, “Nazaalibwa sirina kantu era bwe ntyo bwe ndiddayo. Mukama ye yawa era Mukama yʼaggyeewo, erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.”
”Aliwandula ebyʼobugagga bye yamira; Katonda alireetera olubuto lwe okubisesema.
”kubanga yanyigiriza abaavu nʼabaleka nga bakaaba, yawamba amayumba gʼataazimba.
”Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi, mangwago ne bakka mu ntaana.
”Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga; waggya engoye ku bantu, nʼobaleka bwereere. Tewawa bakoowu mazzi, abaagala wabamma emmere,
”awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo, era ffeeza esingayo obulungi.
”Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo, ne balunda ebisolo bye babbye. Batwala endogoyi ya mulekwa ne batwala ennume ya nnamwandu ngʼomusingo. Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo, ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka. Endogoyi ezʼomu ddungu nga bwe zeeyisa, nʼabaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere; mu ddungu mwe balonderera emmere yʼabaana baabwe. Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye, ne banoga nʼemizabbibu gyʼaboonoonyi. Olwʼokubulwa engoye, basula bwereere; tebalina kye beebikka mu mpewo. Enkuba yʼoku nsozi ebatobya, ne banywegera enjazi olwʼokubulwa we beggama. Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere; omwana omuwere owʼomwavu bamuwamba olwʼebbanja. Olwʼokubulwa engoye bayita bwereere; betikka ebinywa byʼemmere naye basigala tebalidde.
”Olwʼokutya okuzikirizibwa Katonda nʼolwʼobukulu bwe, nnali sisobola kukola bintu ngʼebyo. “Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’ obanga neeyagala olwʼokuba nʼobugagga obungi, oba olwʼokuba emikono gyange gyʼali ginfunyisizza bingi;
”atattira balangira ku liiso era nga tafa ku bagagga kusinga bwʼafa ku baavu, kubanga egyo gye mirimu gyʼemikono gye?
”Awo Mukama nʼaggyawo ennaku ya Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye. Mukama nʼawa Yobu ebintu emirundi ebiri okusinga bye yalina okusooka.
”Awo mu nsi yonna ne wataba bakazi balungi kwenkana bawala ba Yobu. Kitaabwe nʼabawa omugabo ogwʼebintu ogwenkanankana ne gwe yawa bannyinaabwe abalenzi.
”“Nsaba, nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo, era nʼensi yonna gyʼekoma okuba amatwale go.”
”Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna, era nʼababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.
”Kubanga omubi yeewaana ngʼanyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe, agabula aboomululu nʼavuma Mukama.
”Bwʼawola tasaba magoba; so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna. Oyo akola ebyo aliba munywevu emirembe gyonna.
”Mukama, ggwe mugabo gwange, era ggwʼoliisa obulamu bwange; era ggwʼolabirira ebyange. Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa, ddala ddala omugabo omulungi.
”Zabbuli ya Dawudi Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
”Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be, kubanga abamutya tebaajulenga.
”Amagumba gange galyogera nti, “Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama? Kubanga abaavu obadduukirira nʼobawonya ababasinza amaanyi, nʼabali mu kwetaaga nʼobawonya abanyazi.”
”Weesigenga Mukama okolenga bulungi, onoobeeranga nʼemirembe mu nsi nʼofuna ebirungi. Sanyukiranga mu Mukama, anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.
”Nnali muto kati nkaddiye, naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo, wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya. Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe nʼessanyu. Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.
”Abatuukirivu baligabana ensi ne babeeranga omwo emirembe gyonna.
”Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo. Mukama ondowoozeeko. Tolwawo, Ayi Katonda wange. Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Alina omukisa asaasira omunaku; Mukama amulokola ku lunaku olwʼakabi. Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe, era anaamuwanga omukisa mu nsi; nʼatamuwaayo eri okwegomba kwʼabalabe be.
”Abantu abeesiga obugagga bwabwe beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina. Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne, wadde okwegula okuva eri Katonda. Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo, tewali nʼomu agusobola;
”“Mumulabe omusajja ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye, naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi, ne yeeyongera nʼamaanyi ngʼazikiriza abalala.”
”Temwesigamanga ku bujoozi wadde ku bintu ebibbe. Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga, era temubumalirangako mwoyo gwammwe.
”Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bwʼanaamukoowoolanga, nʼomwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi. Anaasaasiranga omunafu nʼomwavu; nʼawonya obulamu bwa kateeyamba.
”Abanafu nʼabatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu nʼabanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya. Mulwanirire abatalina maanyi nʼabali mu kwetaaga, mubawonye; mubanunule nga mubaggya mu mikono gyʼababi.
”Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe; atuwa emikisa gye awamu nʼekitiibwa; tewaliiwo kirungi na kimu kyʼataawa abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
”Alyanukula okusaba kwʼabanaku; talinyooma kwegayirira kwabwe.
”Ennyumba ye enejjulanga ebintu nʼobugagga obungi; era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
”Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba, era akola emirimu gye gyonna nʼobwenkanya, alifuna ebirungi.
”Abaavu abayimusa nʼabaggya mu nfuufu; nʼabali mu kwetaaga nʼabasitula ngʼabaggya mu vvu, Nʼabatuuza wamu nʼabalangira, awamu nʼabalangira abo abafuga abantu be.
”Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu, ebikolebwa nʼengalo zʼabantu,
”Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi, mmwe nʼabaana bammwe. Mukama, eyakola eggulu nʼensi, abawe omukisa.
”Mukama ndimusasula ntya olwʼebirungi bye ebingi bwe bityo byʼankoledde?
”Amaaso gʼabantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama, era bonna gwʼobawa ebyokulya mu biseera byabyo. Oyanjuluza engalo zo, ebiramu byonna nʼobigabira bye byetaaga ne bikkuta.
”Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu. Obugagga obwʼengeri eyo busaanyaawo obulamu bwʼabo ababufuna.
”bwʼonooganoonyanga nga ffeeza, era nʼoganoonyanga ngʼekyobugagga ekyakwekebwa, awo wʼolitegeerera okutya Mukama, era nʼovumbula okumanya Katonda.
”Mukama mugulumizenga nʼebyʼobugagga byo; nʼebibala ebisooka ebyʼebintu byo byonna ebyʼomu nnimiro yo, olwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu, era nʼamasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu.
”Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi, omuntu oyo afuna okutegeera, kubanga amagezi gasinga ffeeza era galimu amagoba okusinga zaabu. Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja agʼomuwendo omungi: era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
”Tommanga birungi abo be bisaanira bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola. Togambanga muliraanwa wo nti, “Genda, onodda enkya ne nkuwa,” ate nga kye yeetaaga okirina.
”Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo, ne weeyama okuyamba omuntu gwʼotomanyi, oli mu katyabaga. Obanga weesibye nʼebigambo ggwe kennyini bye wayogera, ngʼebigambo byʼomu kamwa ko bikusibye, kino mwana wange kyʼoba okola okusobola okwewonya, kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo: Yanguwa, ogende weetoowaze, weegayirire muliraanwa wo. Amaaso go togaganya kwebaka, wadde ebikowe byo okubongoota. Onunule obulamu bwo ngʼempeewo bwʼedduka okuva mu ngalo zʼomuyizzi, era ngʼekinyonyi, bwe kiva mu mutego gwʼomutezi.
”Abantu tebasekerera muntu bwʼabba, olwʼokwewonya enjala. Naye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu; ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna ebyʼomu nju ye.
”Obugagga nʼekitiibwa biri mu nze, obugagga obutakoma nʼokukulaakulana. Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose, nʼebinvaamu bisinga ffeeza eyʼomuwendo omungi. Ntambulira mu kkubo eryʼobutuukirivu, mu kkubo eryʼobwenkanya, nʼabo abanjagala mbagaggawaza era nzijuza amawanika gaabwe.
”Ebyʼobugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa, naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa. Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala, naye aziyiza abakozi bʼebibi okufuna bye beetaaga. Emikono emigayaavu gyavuwaza, naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga. Omuvubuka owʼamagezi akungulira mu biseera ebituufu, naye oyo eyeebakira mu biro ebyʼokukunguliramu mwana aswaza ennyo.
”Obugagga bwʼomugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo, naye obwavu kwe kuzikirira kwʼomwavu.
”Olulimi lwʼomutuukirivu ffeeza ya muwendo, naye omutima gwʼomukozi wʼebibi gugasa katono. Ebigambo byʼomutuukirivu biriisa abantu bangi, naye abasirusiru bazikirira olwʼokubulwa amagezi. Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga era tagwongerako buyinike.
”Minzaani eteri ya mazima ya muzizo eri Mukama, naye ebipimo ebituufu bye bimusanyusa.
”Eyeeyimirira omuntu gwʼatamanyiko alibonaabona, naye oyo akyawa okweyimirira aliba bulungi. Omukazi owʼekisa aweebwa ekitiibwa, naye abasajja abʼamawaggali bakoma ku bugagga bwokka.
”Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala; naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala. Omuntu agaba anagaggawalanga, nʼoyo ayamba talibulako amuyamba. Abantu bakolimira oyo akweka eŋŋaano mu kiseera ekyʼobwetaavu, naye oyo agitunda mu kiseera ekyo afuna emikisa. Oyo anyiikira okukola obulungi afuna okuganja, naye oyo anoonya ekibi, kimujjira. Oyo eyeesiga obugagga bwe aligwa, naye abatuukirivu banaakulaakulananga ne baba ngʼamalagala amalamu.
”Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka nʼatabaako kyʼafuna, naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.
”Omuntu omu ayinza okwefuula omugagga ate nga taliiko kyʼalina, ate omulala ne yeefuula okuba omwavu so nga mugagga nnyo. Obugagga bwʼomuntu buyinza okumununula, naye omwavu talina kyʼatya.
”Ensimbi enkumpanye ziggwaawo, naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.
”Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika, naye obugagga bwʼomwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.
”Omwavu alagajjalirwa abantu nga ne muliraanwa we omutwaliddemu, naye abagagga baba nʼemikwano mingi. Anyooma muliraanwa we akola kibi, naye alina omukisa oyo asaasira abaavu. Abateekateeka okukola ebibi, tebawaba? Naye okwagala nʼamazima binaabeeranga nʼabo abateesa okukola obulungi. Buli mulimu ogukolebwa nʼamaanyi gubaako amagoba, naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.
”Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda, naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.
”Mu nnyumba yʼomutuukirivu mubaamu obugagga bungi, naye omukozi wʼebibi byʼafuna, bimuleetera emitawaana.
”Okuba nʼakatono ngʼotya Mukama, kusinga okuba nʼebingi naye ngʼoli mu mitawaana. Okulya emmere ngeriko enva endiirwa awali okwagalana, kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.
”Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana, naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.
”Akatono akafune mu butuukirivu, kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu.
”Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu, era nʼokufuna okutegeera kikira ffeeza!
”Okulya akamere akaluma awali emirembe, kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo. Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi, era alifuna ebyobusika ngʼomu ku baana bʼawaka. Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, nʼekikoomi kyʼokulongoosa lwa zaabu, naye Mukama agezesa emitima.
”Omuntu atalina magezi awa obweyamo ne yeetema okusasula amabanja ga muliraanwa we.
”Omwavu yeegayirira, naye omugagga addamu na bbogo.
”Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olwʼekikolwa kye ekyo.
”Omugayaavu talima mu budde butuufu, kyanaavanga anoonya ebyʼamakungula nga talina kantu.
”Ebipima obuzito ebitatuuka nʼebigera ebikyamu, byombi bya muzizo eri Mukama.
”Emmere enfune mu bukyamu ewooma mu kulya, naye emufuukira amayinja mu kamwa.
”Ebyʼobusika ebifune ngʼekiseera kyabyo tekinnatuuka, ku nkomerero tebiba na mukisa.
”Enteekateeka zʼomunyiikivu zivaamu magoba meereere, naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu. Okufuna obugagga nʼolulimi olulimba, mpewo buwewo etwalibwa eruuyi nʼeruuyi era mutego gwa kufa.
”Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kwʼomwavu, naye alikoowoola nga talina amwanukula.
”Aganza ebyʼamasanyu anaabanga mwavu, nʼoyo ayagala omwenge nʼamafuta taligaggawala. Abakozi bʼebibi batuukibwako emitawaana egyandigudde ku balungi, nʼekyandituuse ku bʼamazima kituuka ku batali beesigwa. Okubeera mu ddungu, kisinga okubeera nʼomukazi omuyombi anyiiganyiiga. Mu nnyumba yʼomutuukirivu mubaamu ebyʼobugagga ebyʼomuwendo, naye omusirusiru ebibye byonna abyonoona.
”Okwetaaga kwʼomugayaavu lwe luliba olumbe lwe, kubanga emikono gye tegyagala kukola. Olunaku lwonna aba yeegomba kweyongezaako, naye omutuukirivu agaba awatali kwebalira.
”Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga ebyʼobugagga ebingi, nʼokuganja kusinga ffeeza oba zaabu. Abagagga nʼabaavu balina kimu ekibagatta, Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.
”Omugagga afuga abaavu, naye eyeewola aba muddu wʼoyo amuwola. Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana, nʼoluga olwʼobusungu bwe lulizikirizibwa. Omuntu omugabi anaabanga nʼomukisa, kubanga emmere ye agirya nʼabaavu.
”Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala, nʼoyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.
”Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu, oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga. Kubanga Mukama alibawolereza, nʼabo ababanyaga alibanyaga.
”Teweegattanga ku abo abeeyama, newaakubadde ku abo abeeyimirira abʼamabanja. Bwʼoliba nga tolina kya kusasula ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.
”Teweemalangako mirembe ngʼoyaayaanira obugagga; weefuge obeere mukkakkamu. Ebyʼobugagga obikubako eriiso limu nga byʼagenze dda, kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro ne bibuuka mu bbanga ngʼempungu.
”Kubanga omutamiivu nʼomuluvu baavuwala, nʼokubongoota olutata kubambaza enziina.
”Amagezi ge gazimba ennyumba, nʼokutegeera kwe kugiggumiza. Olwʼamagezi ebisenge byʼayo bijjula ebintu ebirungi, ebyʼobugagga ebitalabikalabika ebyʼomuwendo omungi.
”Otulo otutonotono, nʼokusumagira akatono, nʼokufunya emikono okuwummulako, obwavu bulikutuukako ngʼomutemu, era nʼobwetaavu ngʼomubbi.
”Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde, kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.
”Omulabe wo bwʼaba alumwa enjala, muwe emmere alye, bwʼaba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe. Kubanga oliba otuuma amanda gʼomuliro ku mutwe gwe, era Mukama alikuwa empeera.
”Kubanga ebyʼobugagga tebibeerera mirembe gyonna, nʼengule tebeerera mirembe gyonna.
”Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga omugagga owʼamakubo amakyamu. Oyo akuuma amateeka ga Mukama mwana eyeegendereza, naye mukwano gwʼabʼomululu akwasa kitaawe ensonyi. Ayongera ku bugagga bwe mu bukumpanya, abukuŋŋaanyiza omulala anaayinza okuba owʼekisa eri abaavu.
”Omugagga alowooza nti mugezi, naye omwavu alina okutegeera, amunyooma.
”Omuntu alima ennimiro ye aliba nʼemmere nnyingi, naye oyo ali mu birowoozo ebitaliimu alifa bwavu. Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi, naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa. Okuttira abantu ku liiso ngʼosala emisango si kirungi, naye ate olwʼokunoonya akookulya omuntu ayinza okuzza omusango. Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala, naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde. Oyo anenya omuntu, oluvannyuma aliganja, okusinga oyo awaaniriza nʼolulimi. Buli anyaga kitaawe, oba nnyina, nʼagamba nti, “Si nsonga,” afaanana nʼoyo azikiriza.
”Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga, naye abakodowalira anaabanga nʼebikolimo bingi.
”Omutuukirivu afaayo ku nsonga zʼabaavu, naye abakozi bʼebibi tebakola bwe batyo.
”Buli assa ekimu nʼomubbi akyawa obulamu bwe ye, era ne bwʼalayizibwa tasaanira kubaako kyʼayogera.
”Ebigambo ebyʼobutaliimu nʼebyʼobulimba binteeke wala, ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza, naye ndiisanga emmere eya buli lunaku. Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti, “Mukama ye yʼani?” Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.
”Yogera olamulenga nʼobwenkanya, olwanirirenga abaavu nʼabali mu bwetaavu. Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Wa muwendo nnyo okusinga amayinja agʼomuwendo ennyo.
”Ayanjululiza abaavu omukono gwe, nʼagololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.
”Natandikawo emirimu egyʼamaanyi: ne neezimbira amayumba ne neesimbira ennimiro ezʼemizabbibu. Ne neerimira ennimiro, ne neekolera nʼebifo ebigazi, ne nsimbamu buli ngeri ya miti egyʼebibala. Ne neesimira ebidiba omuva amazzi agʼokufukirira ebibira byʼemiti emito. Neefunira abaddu abasajja nʼabakazi, era nalina abaddu abaazaalirwa mu nnyumba yange. Ne mbeera nʼamagana gʼente nʼebisibo byʼendiga okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemi. Ne neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka nʼegyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja nʼabakazi, ne nfuna nʼebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira nʼabakazi. Ne nfuuka mukulu ne nsukkirira bonna abansooka mu Yerusaalemi. Mu ebyo byonna nasigala siweebuuse mu magezi. Na buli amaaso gange kye gaayagala okulaba sa kigamma, omutima gwange ne ngusanyusa mu buli kimu. Omutima gwange gwasanyukira bye nakola byonna, era eyo yʼempeera yange olwʼokutegana kwange kwonna. Awo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola, nʼokutegana kwonna nga nkola, laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo, tewaali na kimu kye nagobolola wansi wʼenjuba.
”Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala; wadde oyo alulunkanira obugagga nʼamagoba: na kino nakyo butaliimu.
”Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina nʼajja mu nsi nga talina kintu, bwʼatyo bwʼaliddayo nga mwereere ngʼava mu nsi. Tewali kyʼaggya mu mirimu gye, wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.
”Ate Katonda bwʼawa omuntu obugagga, nʼebintu nʼamusobozesa okubyeyagaliramu, nʼokutegeera omugabo gwe nʼokusanyukira byʼakoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda.
”Katonda awa omuntu obugagga, nʼamuwa ebintu ebingi awamu nʼekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga nʼakifuna; naye Katonda nʼamumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira nʼajja nʼabisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!
”Ekijjulo kikolebwa lwa kusanyuka, ne wayini yeeyagaza obulamu, naye ensimbi yʼesobola byonna.
”Ku makya siga ensigo zo, nʼakawungeezi toddiriza mukono gwo; kubanga tomanyi eziryala, zino oba ziri, oba zombi ziriba nnungi.
”Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu, nʼobugagga bwabwe tebuliiko kkomo: ensi yaabwe ejjudde embalaasi, era erimu nʼamagaali gʼembalaasi mangi nnyo. Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe, basinza omulimu gwʼemikono gyabwe bo, engalo zaabwe gwe zeekolera.
”okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde; era nʼokunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe, ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe, nʼabatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
”Naye omuntu owʼekitiibwa akola entegeka za kitiibwa, era ku bikolwa bye ebyʼekitiibwa kwʼanywerera.
”“Kale mujje, mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi. Mujje mmwe abatalina ssente zigula, mujje muweebwe bye mwagala, envinnyo oba amata ebitali bya kugula ebitaliiko miwendo gya kusasula. Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya muteganira ebyo ebitakkusa? Mumpulirize, mumpulirize nʼobwegendereza mulye ebyo ebirungi, emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.
”Si kugabira bayala ku mmere yo, nʼokusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo; bwʼolaba ali obwereere, nʼomwambaza nʼotekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
”bwʼolyewaayo okuyamba abayala nʼodduukirira abali mu buzibu, olwo omusana gwo gulyaka nʼova mu kizikiza, ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
”Kino oli wakukirabako ojjule essanyu, omutima gwo, gujjule okweyagala nʼokujaguza. Obugagga bwʼamawanga bulyoke bukuleetebwe, era nʼebirungi byonna ebyʼomu nnyanja birikweyuna. Ebisibo byʼeŋŋamira birijjula ensi yammwe, eŋŋamira ento ezʼe Midiyaani ne Efa. Era ne zonna ezʼe Seba zirijja nga zeetisse zaabu nʼobubaane okulangirira ettendo lya Katonda.
”Mu kifo kyʼekikomo ndireeta zaabu, mu kifo kyʼekyuma ndireeta effeeza, mu kifo kyʼomuti ndireeta kikomo, ne mu kifo kyʼamayinja ndeete ekyuma. Emirembe gye girifuuka omufuzi wo nʼobutuukirivu ne buba omukulembeze wo.
”Okola ki ggwe, ggwe eyayonoonebwa? Lwaki oyambala engoye entwakaavu, ne weeteekako ebyʼobugagga ebya zaabu, nʼamaaso nʼogasiiga langi? Omala biseera nga weeyonja. Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta.
”Ndiwaayo ebyʼobugagga byo nʼebintu byo ebyʼomuwendo ennyo binyagibwe awatali kusasulwa, olwʼebibi byo byonna ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.
”Gwe abeera okumpi nʼamazzi amangi, omugagga mu bintu ebyʼomuwendo, enkomerero yo etuuse, ekiseera kyo ekyʼokuzikirizibwa kituuse.
”Abantu be bonna basinda nga bwe banoonya ekyokulya; ebyʼobugagga byabwe babiwanyisaamu emmere, okusobola okuba abalamu. “Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo kubanga nnyoomebwa.”
”Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubalokola ku lunaku lwa Mukama olwʼobusungu bwe, era tebalikkuta newaakubadde okukkusibwa. Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.
”“Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza: ye ne bawala be baali baamalala, nga baamululu abatafaayo, wadde okuyamba abaavu abaali mu bwetaavu. Baali baamalala, era baakola ebikolwa ebyʼekivve mu maaso gange, kyennava mbaggyawo nga bwe nasiima.
”omuntu atalyazaamaanya muntu yenna, naye asasula ebbanja lye lyonna, atanyaga muntu yenna, naye emmere ye agigabira abayala, nʼayambaza nʼabali obwereere; atawola lwa magoba newaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola. Yeewala okukola ekibi, era asala emisango egyʼensonga. Agoberera ebiragiro byange, nʼakuuma amateeka gange nʼobwesigwa, oyo ye muntu omutuukirivu era aliba mulamu,” bwʼayogera Mukama Katonda.
”nʼanyigiriza omwavu nʼomunaku, nʼokubba nʼabba, nʼatasasula kye yeeyama, nʼasinza bakatonda abalala, nʼakola ebyʼekivve, nʼawola ngʼasuubira amagoba, oba nʼokutwala ensimbi ezisukka mu ezo ze yawola; omuntu ngʼoyo aliba mulamu? Taliba mulamu. Kubanga akoze ebintu ebyo byonna ebyʼekivve, kyaliva attibwa, nʼomusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.”
”Mu mmwe mulimu abantu abalya enguzi okuyiwa omusaayi, ne basolooza amagoba agasukkiridde ne bafuna ekisukkiridde okuva ku baliraanwa baabwe mu ngeri eyʼobukumpanya, era munneerabidde, bwʼayogera Mukama Katonda.
”Abantu abʼomu nsi bakola ebyʼobukumpanya ne babba; banyigiriza omwavu ne babonyaabonya ne munnaggwanga ne batabasalira musango mu bwenkanya.’ ” “Ne nnoonya omuntu mu bo ayinza okuzimba ekisenge era ayinza okubeeyimiririra mu maaso gange ku lwʼensi, naye ne siraba nʼomu.
”Mu magezi go ne mu kutegeera kwo weefunidde ebyʼobugagga, nʼokuŋŋaanya ezaabu nʼeffeeza nʼobitereka mu mawanika go. Olwʼobukujjukujju bwo mu byʼobusuubuzi oyongedde okugaggawala, era nʼomutima gwo gwenyumiririza mu byobugagga bwo.” Mukama Katonda kyava ayogera nti, “Kubanga olowooza ngʼoli mugezi, ngʼoli mugezi nga katonda, kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba, abʼomu mawanga agasinga obukambwe, ne basowola ebitala byabwe eri obulungi nʼamagezi go, ne boonoona okumasamasa kwo.
”Muligamba nti, “Ndirumba ensi eyʼebyalo ebitaliiko nkomera, ndirumba eggwanga erijjudde emirembe era eriteeteeseteese, bonna nga babeera mu bigango okutali nkomera newaakubadde ebyuma ebyʼamaanyi. Ndibba ne nnyaga ne nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu, abantu abaakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga agʼenjawulo gye babeera, abalina obugagga bwʼente nʼebintu ebirala, ababeera wakati mu nsi.” Seeba ne Dedani nʼabasuubuzi abʼe Talusiisi nʼabʼebyalo bye bonna balibabuuza nti, “Muzze kunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwale effeeza yaffe ne zaabu yaffe, nʼebisolo byaffe nʼebintu byaffe ebirala, mutwale omunyago omunene?”
”Awo Berusazza, yali ngʼanywa omwenge, nʼatumya ebikompe ebya zaabu nʼebya ffeeza, Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu mu Yerusaalemi, ye nʼabakungu be, nʼabakyala be nʼabazaana be babinyweremu. Era ne baleeta ebikompe ebya zaabu nʼebya ffeeza ebyaggyibwa mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, kabaka nʼabakungu be, nʼabakyala be nʼabazaana be ne babinyweramu. Ne banywa omwenge ne batandika okutendereza bakatonda aba zaabu nʼaba ffeeza, nʼabʼebikomo, nʼabʼekyuma, nʼabʼemiti nʼabʼamayinja.
”Gye beeyongera okuba abangi, gye baakoma nʼokukola ebibi; baasuula ekitiibwa kyabwe ne banswaza.
”Omusuubuzi akozesa ebipimo ebyʼobulimba, era anyumirwa okukumpanya. Efulayimu yeewaana ngʼayogera nti, “Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi. Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi wadde okwonoona kwonna.”
”“Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo. Lyali ggye lyange eryʼamaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera, nʼenzige ezisala obusazi, awamu nʼezo ezizikiririza ddala. Kale, munaabanga nʼebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga. Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo. Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
”Olinnyirira omwavu, nʼomuwaliriza okukuwa emmere eyʼempeke. Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba agʼamayinja, temuligabeeramu; era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro zʼemizabbibu ennungi, temulinywa ku wayini waamu. Ebibi byammwe mbimanyi, nga bingi ate nga bisasamaza. Munyigiriza omutuukirivu ne mulya nʼenguzi, abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.
”Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola, era abasaanyaawo abanaku bʼomu nsi, nga mwogera nti, “Ennaku enkulu ezʼOmwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi, tulyoke tutunde emmere yaffe eyʼempeke, era ne Ssabbiiti eggwaako ddi, tutunde eŋŋaano yaffe?” Mukozesa minzaani enkyamu ne mwongera emiwendo ne mukozesa nʼebipimo ebitatuuse, mmwe abagula abaavu nʼeffeeza nʼabanaku ne mubagula nʼomugogo gwʼengatto, ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.
”Beegomba ebyalo ne babitwala, ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala. Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olwʼamaanyi, ne bamubbako ebyobusika bwe.
”“Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti, ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye! Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’ Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde, era tebalizuukuka ne bakweraliikiriza? Oliba togudde mu mikono gyabwe?
”Obugagga bwabwe bulinyagibwa, nʼennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe. Ne bwe balizimba ennyumba tebalizituulamu, era balisimba ennimiro ezʼemizabbibu nazo tebalinywa wayini wamu.
”Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubataasa ku lunaku olwʼobusungu bwa Mukama. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro gwʼobuggya bwe, era alimalirawo ddala abo bonna abali mu nsi.
”‘Effeeza yange, ne zaabu yange,’ bwʼayogera Mukama owʼeggye.
”Ne ndyoka mbagamba nti, “Bwe kiba nga kisaanidde mu maaso gammwe mumpe empeera yange; naye obanga temusiimye mulekeeyo.” Awo ne bambalira ensimbi eza ffeeza amakumi asatu. Awo Mukama nʼaŋŋamba nti, “Zisuulire omubumbi,” omuwendo guno ogwʼekitalo gwe bansasula! Kale ne ntwala ensimbi amakumi asatu eza ffeeza ne nzisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.
”Omuntu alinyaga Katonda?” “Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’ ” “Mu biweebwayo ne mu kimu ekyʼekkumi. Mukolimiddwa ekikolimo ekyo, kubanga mmwe, eggwanga lyonna munnyaga nze. Muleete ekimu ekyʼekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bwʼayogera Mukama owʼEggye, “obanga siribaggulirawo ebituli ebyʼomu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya.
”Bwe baayingira mu nnyumba ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, nʼobubaane nʼomugavu.
”“Balina omukisa abaavu mu mwoyo, kubanga abo Obwakabaka obwʼomu ggulu bwe bwabwe.
”Balina omukisa abalumwa enjala olwʼobutuukirivu kubanga abo balikkusibwa.
”Omuntu bwʼayagalanga okuwoza naawe atwale essaati yo, omulekeranga nʼekkooti yo. Nʼoyo akuwalirizanga okumwetikkirako omugugu gwe kilomita emu, omutwalirangako nʼeyokubiri. Akusaba omuwanga, nʼoyo ayagala okukwewolako tomukubanga mabega.”
”“Mwegendereze, ebikolwa byammwe ebyʼobutuukirivu obutabikoleranga mu lujjudde lwʼabantu nga mwagala babasiime, kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.” “Bwʼobanga ogabira omwavu ekintu teweeraganga nga bannanfuusi bwe bakola ne basooka okufuuwa eŋŋombe mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, nga bagenda okugabira abaavu, abantu babalabe babawe ekitiibwa. Ddala ddala mbagamba nti Abo, eyo yʼempeera yaabwe. Naye ggwe bwʼobanga ogabira omuntu yenna ekintu omukono gwo ogwa kkono guleme kumanya ogwa ddyo kye gukola. Kale Kitaawo amanyi ebyama byonna alikuwa empeera.”
”Tuwe emmere yaffe eya leero. Tusonyiwe ebyonoono byaffe nga naffe bwe tusonyiwa abatwonoona.
”“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje nʼobutalagge, nʼababbi kwe bayinza okubibbira. Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, nʼababbi gye batayinza kuyingira kububba. Kubanga obugagga bwo gye bubeera nʼomutima gwo gye gubeera.”
”“Tewali nʼomu ayinza kuweereza baami babiri, kubanga alikyawako omu nʼayagala omulala oba aliwulirako omu nʼanyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona. ”
”“Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, nʼomubiri gusinga ebyambalo. Mulabire ku nnyonyi ezʼomu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu mawanika, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo? Ani ku mmwe, bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe eddakiika nʼemu?” “Naye lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mulabire ku malanga agʼoku ttale! Tegaliiko kye geekolera, naye ne Kabaka Sulemaani mu kitiibwa kye teyayambalako ngʼerimu ku go. Naye obanga Katonda ayambaza obulungi bwʼatyo omuddo ogwʼomu nsiko ogwʼekiseera obuseera, oguliwo kaakano ate enkya nga gwokeddwa, mmwe talibambaza nnyo nʼokusinga omuddo ogwo? Nga mulina okukkiriza okutono! Noolwekyo temweraliikiririranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki? Oba nti, Tunaanywa ki? Oba nti, Tunaayambala ki?’ Ebyo byonna Bannamawanga bye bayaayaanira. Naye Kitammwe ali mu ggulu amanyi ngʼebyo byonna mubyetaaga. Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda nʼobutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako. Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olwʼenkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala.”
”“Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo. Kubanga buli asaba aweebwa, na buli anoonya azuula, na buli akonkona aggulirwawo.”
”Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?
”Yesu nʼamuddamu nti, “Ebibe birina obunnya mwe bisula, nʼennyonyi ezʼomu bbanga zirina ebisu, naye Omwana wʼOmuntu talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”
”Temubanga na zaabu oba ffeeza wadde ekikomo mu nkoba zammwe, wadde ensawo eyʼoku mugongo, wadde essaati ebbiri, wadde omugogo gwʼengatto omulala, wadde omuggo. Kubanga omukozi asaanira okuweebwa ebyʼokumuyamba.
”Ddala ddala mbagamba nti buli aliwa omu ku baana bano abato egiraasi yʼamazzi agannyogoga olwʼerinnya lyʼomuyigiriza talibulwa mpeera ye nʼakatono.”
”Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera ne zibala bulungi, ne zivaamu emirundi amakumi asatu, nʼendala emirundi nkaaga nʼendala emirundi kikumi.
”Nʼensigo eyagwa mu maggwa efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kwʼebintu byʼensi nʼobugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala. Naye ensigo eyagwa ku ttaka eddungi efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo nʼakitegeera, nʼabalira ddala ebibala, nʼabala ebibala amakumi asatu, oba nkaaga oba kikumi.”
”“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana nʼekyobugagga ekyakwekebwa mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olwʼessanyu lye yafuna nʼagenda nʼatunda bye yalina byonna, nʼagula ennimiro eyo. “Ate era obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼomusuubuzi wʼamayinja agʼomuwendo omungi eyali anoonya amayinja agʼomuwendo, bwe yazuula ejjinja erimu eryʼomuwendo nʼagenda nʼatunda bye yalina byonna nʼaligula.
”Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye nʼafiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olwʼobulamu bwe?
”Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza bʼomusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa musolo?” Peetero nʼabaddamu nti, “Awa!” Peetero nʼayingira mu nnyumba. Naye Yesu nʼamwesooka nʼamubuuza nti, “Olowooza otya Simooni, bakabaka bʼensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?” Peetero nʼaddamu nti, “Basolooza ku bannamawanga.” Yesu nʼamugamba nti, “Kale bannansi bo ba ddembe.” “Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja kyʼonoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri, ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange nʼogugwo.”
”Awo Yesu nʼagamba nti, “Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaananyizibwa nga kabaka eyayagala okubala ebitabo bye ebyʼensimbi, nʼabaddu be. Bwe yatandika okubikebera ne bamuleetera gwʼabanja ettalanta omutwalo gumu. Naye olwʼokuba ngʼomusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we nʼabaana be nʼebintu bye byonna ebbanja liggwe. “Naye omuddu oyo nʼagwa wansi mu maaso ga mukama we, nʼamwegayirira nti, ‘Ngumiikiriza, nzija kukusasula ebbanja lyonna.’ “Mukama we nʼasaasira omuddu oyo nʼamusonyiwa ebbanja lyonna! “Omuddu oyo bwe yafuluma nʼasanga munne gwe yali abanja eddinaali kikumi, nʼamugwa mu bulago nga bwʼamugamba nti, ‘Ssasula kye nkubanja.’ “Naye munne nʼagwa wansi, nʼamwegayirira ngʼagamba nti, ‘Ngumiikiriza, nnaakusasula’. “Naye amubanja nʼagaana okumuwuliriza, nʼamuteeka mu kkomera akuumirwe omwo okutuusa lwʼalisasula ebbanja lyonna. Awo baddu banne bwe baakiraba ne banakuwala nnyo, ne bagenda bategeeza mukama we ebigambo bye balabye. “Awo mukama we nʼatumya omuddu gwe yali asonyiye nʼamugamba nti, ‘Oli muddu mubi nnyo. Nakusonyiye ebbanja eryo lyonna, kubanga wanneegayiridde, naye ggwe kyali tekikugwanira kusaasira muddu munno nga nange bwe nakusaasidde?’ Mukama we kyeyava asunguwala nnyo, nʼamukwasa abaserikale bamusse mu kkomera okutuusa lwʼalisasula ebbanja lyonna. “Kale ne Kitange ali mu ggulu bwʼatyo bwʼalibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”
”Yesu nʼamugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba nʼobugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.” Naye omuvubuka bwe yawulira ebyo nʼagenda ngʼanakuwadde kubanga yali mugagga.
”Awo Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Ddala ddala mbagamba nti, kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka obwʼomu ggulu. Era mbategeeza nti Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo yʼempiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!” Ebigambo ebyo abayigirizwa be ne bibeewuunyisa nnyo, nʼokugamba ne bagamba nti, “Kale ani ayinza okulokoka?” Yesu nʼabatunuulira, nʼabaddamu nti, “Mu buntu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna.”
”Awo Peetero nʼabuuza Yesu nti, “Ffe twaleka byonna ne tukugoberera. Kale ffe tulifuna ki?” Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana wʼOmuntu bwʼalituula ku ntebe ye eyʼekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi nʼebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi nʼebibiri. Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olwʼerinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.
”Awo Yesu nʼabagamba nti, “Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼomuntu ssemaka, eyakeera mu makya nʼapangisa abakozi okukola mu nnimiro ye eyʼemizabbibu. Nʼalagaana nʼabapakasi okubasasula omuwendo eddinaali emu emu, ze zaali ensimbi ezʼolunaku olumu. Nʼabasindika mu nnimiro ye eyʼemizabbibu. “Bwe waayitawo essaawa nga bbiri nʼasanga abalala nga bayimiridde mu katale nga tebalina kye bakola, nabo nʼabagamba nti, ‘Nammwe mugende mu nnimiro yʼemizabbibu, era nnaabasasula empeera ebasaanira.’ Ne bagenda. Ku ssaawa omukaaga ne ku mwenda nʼasindikayo abalala mu ngeri yʼemu. “Essaawa nga ziweze nga kkumi nʼemu nʼasanga abalala nga bayimiridde awo, nʼababuuza nti, ‘Lwaki muyimiridde awo olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’ “Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tetufunye atuwa mulimu.’ Nʼabagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange eyʼemizabbibu.’ “Awo obudde nga buwungeera nannyini nnimiro nʼalagira nampala ayite abakozi abawe empeera yaabwe ngʼasookera ku bʼoluvannyuma. “Abaatandika ku ssaawa ekkumi nʼemu ne baweebwa eddinaali emu emu. Bali abaasookayo bwe bajja ne basuubira nti Bo ze banaasasulwa zijja kusingako obungi. Naye nabo yabasasula omuwendo gwe gumu ogwʼolunaku olumu nga bali. Bwe baagifuna ne beemulugunyiza nannyini nnimiro nga bagamba nti, ‘Bano abooluvannyuma baakoledde essaawa emu yokka naye lwaki obawadde empeera eyenkana eyaffe, ffe abaakoze okuva mu makya ne mu musana gwʼomu tuntu?’ “Mukama waabwe kwe kuddamu omu ku bo nti, ‘Munnange si kubbye; bwe wabadde otandika okukola tetwalagaanye eddinaali emu? Twala eddinaali yo ogende. Naye njagala nʼono asembyeyo okumuwa empeera yʼemu nga gye nkuwadde. Siyinza kukozesa byange nga bwe njagala? Obuggya bukukutte kubanga ndi wa kisa?’ “Kale nno bwe kityo bwe kiriba abooluvannyuma ne baba aboolubereberye, nʼaboolubereberye ne baba abooluvannyuma.”
”Awo Yesu nʼayingira mu Yeekaalu nʼagobamu abasuubuzi bonna nʼavuunika emmeeza zʼabaali bawaanyisa ensimbi nʼentebe zʼabaali batunda amayiba. Nʼabagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku yʼabanyazi.’”
”Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiriwa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba nedda?” Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, nʼabagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali. Nʼababuuza nti, “Kino ekifaananyi nʼobuwandiike ebiriko byʼani?” Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” Nʼabagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, nʼebya Katonda mubiwenga Katonda.”
”“Zibasanze, mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muwaayo ekirabo ekyʼekitundu ekyʼekkumi ku buli kantu okutuukira ddala ne ku kalagala akasinga obutono, naye ne mulagajjalira ebintu ebisinga obukulu ebyʼamateeka, ngʼobwenkanya, nʼokusaasira nʼokukkiriza. Weewaawo musaanidde okuwaayo ekitundu ekyʼekkumi, naye ebintu ebirala ebisinga obukulu temusaanidde kubiragajjalira.
”“Obwakabaka bwa Katonda, ate bufaananyizibwa nʼolugero lwʼomusajja eyali agenda olugendo, nʼayita abaddu be nʼabalekera ebintu bye. Eyasooka yamuwa ttalanta ttaano, owookubiri bbiri nʼowookusatu emu, ngʼageraageranya ngʼokusobola kwa buli omu bwe kwali. Bwʼatyo ne yeetambulira. Omusajja eyafuna ttalanta ettaano nʼazisuubuzisa nʼafunamu ttalanta ttaano endala. Nʼoyo eyalekerwa ttalanta ebiri naye nʼaviisaamu endala biri. Naye eyaweebwa ttalanta emu, bwe yagifuna nʼagenda nʼaziika ttalanta ya mukama we mu ttaka. “Awo nga wayiseewo ekiseera kiwanvu, mukama wʼabaddu abo nʼakomawo. Nʼayita abaddu be bamutegeeze ebyafa ku ttalanta ze yabalekera. Omusajja gwe yalekera ttalanta ettaano nʼajja nʼamuleetera ttalanta endala ttaano ngʼagamba nti, “Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano. Mukama we nʼamugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’ “Eyalekerwa ttalanta ebiri naye nʼajja, nʼategeeza mukama we nti, ‘Ssebo, wandekera ttalanta bbiri, era ne nziviisaamu ttalanta endala bbiri.’ “Mukama we nʼamugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira osanyukire wamu ne mukama wo.’ “Omusajja eyalekerwa ttalanta emu nʼajja, nʼagamba nti, ‘Ssebo, nakumanya nga bwʼoli omuntu omuzibu, okungulira gyʼotaasigira era okuŋŋaanyiza gyʼotaasaasaanyiza. Olwʼokutya bwe wagenda ne nkweka ttalanta yo mu ttaka era yiino ttalanta yo.’ “Naye mukama we nʼamugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi era omugayaavu! Obanga wamanya nti Ndi muntu akungulira gye ssaasigira, wanditadde ttalanta yange mu bbanka gye bandimpaddemu amagoba nga nkomyewo.’ “Nʼalagira nti, ‘Mumuggyeeko ettalanta eyo mugiwe oli alina ttalanta ekkumi. Kubanga alina aliweebwa abe na bingi naye atalina, nʼebyo byʼalina ebitono birimuggyibwako. Nʼomuddu oyo ataliiko kyʼagasa mumusuule ebweru mu kizikiza eri okukaaba nʼokuluma obujiji.’
”“Awo Kabaka nʼalyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kwʼensi. Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza, nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’ “Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala ne tukuliisa? Oba ngʼolina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? Oba ngʼoli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ngʼoli bwereere, ne tukwambaza? Twakulaba ddi ngʼoli mulwadde oba ngʼoli mu kkomera ne tukulambula?’ “Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’
”“Bwʼatyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa, nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’ “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala oba ngʼoli muyonta, oba ngʼoli mugenyi oba ngʼoli bwereere oba mulwadde oba ngʼoli mu kkomera, ne tutakuyamba?’ “Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’
”ngʼali ku mmeeza, omukazi nʼajja gyʼali ngʼalina eccupa yʼamafuta agʼakaloosa agʼomuwendo omungi, nʼagafuka ku mutwe gwa Yesu. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta agʼomuwendo gatyo! Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi nʼazigabira abaavu.” Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, nʼabagamba nti, “Lwaki mutawanya omukazi? Ankoledde ekintu ekirungi. Bulijjo abaavu muli nabo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.
”Nʼababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda nʼanoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe.
”Awo Yuda, eyali amuliddemu olukwe, bwe yalaba nga Yesu bamusalidde omusango gwa kufa, nʼazzaayo ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza eri bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya, ngʼagamba nti, “Nnyonoonye, kubanga ndiddemu olukwe omusaayi ogutalina musango.” Naye ne bamuddamu nti, “kyo kitukwatako kitya? Ezo nsoga zo.” Kyeyava addira ensimbi eza ffeeza nʼaziyiwa mu Yeekaalu nʼafuluma nʼagenda yeetuga! Bakabona abakulu ne balondalondawo ensimbi eza ffeeza, ne bagamba nti, “Kya muzizo okuzissa mu ggwanika lya yeekaalu kubanga muwendo gwa musaayi.” Bwe baamala okukikubaganyaako ebirowoozo, ne basalawo okuzigulamu ennimiro ababumbi mwe baggyanga ebbumba. Ne bateesa ennimiro eyo okugifuula ekifo ekyʼokuziikangamu abagwira. Kyebaava batuuma ennimiro eyo, “Ennimiro yʼOmusaayi” nʼokutuusa leero. Kino ne kituukiriza nnabbi Yeremiya bye yayogera nti, “Baddira ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, nga gwe muwendo abaana ba Isirayiri gwe baamulamula, ne bagulamu ennimiro eyali eyʼababumbi, nga Mukama bwe yalagira.”
”Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ezo ne zibala ebibala, ezimu emirundi amakumi asatu, endala emirundi nkaaga, nʼendala kikumi.”
”Ate endala ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, naye okweraliikirira nʼokusikirizibwa ebyʼobugagga nʼokwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala. Ettaka eddungi gyʼemitima gyʼabantu abawulira ekigambo ne bakkiririza ddala era ne bavaamu ebibala, emirundi amakumi asatu, abalala emirundi nkaaga, nʼabalala kikumi.”
”Naye Yesu nʼabaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya.” Ne bamubuuza nti, “Tugende tubagulire emmere nga ya dinaali ebikumi bibiri, tugibawe balye?” Yesu nʼababuuza nti, “Mulina emigaati emeka? Mugende mulabe.” Bwe baamala okwetegereza ne bamugamba nti, “Waliwo emigaati etaano nʼebyennyanja bibiri.” Awo Yesu nʼalagira abantu bonna batuule wansi ku muddo mu bibinja. Awo ne batuula mu bibinja, ebyʼabantu ataano ataano, awalala kikumi kikumi. Yesu nʼatoola emigaati etaano nʼebyennyanja ebibiri nʼayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. Nʼamenyaamenya emigaati nʼebyennyanja ebibiri, nʼabiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna. Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bwʼemigaati nʼobwʼebyennyanja ebibbo kkumi na bibiri. Abasajja abaalya emigaati baali enkumi ttaano.
”nʼokwegomba, nʼomutima omubi, nʼobukuusa, nʼobumenyi bwʼamateeka, nʼobuggya, nʼokusekeeterera, nʼobusirusiru. Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona.”
”Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Naye oyo awaayo obulamu bwe ku lwange ne ku lwʼEnjiri alibuwonya. Kale omuntu agasibwa ki singa alya ensi yonna, naye nʼafiirwa obulamu bwe? Omuntu ayinza kuweebwa ki, akiwanyise olwʼobulamu bwe?
”Yesu nʼamutunuulira enkaliriza, nʼamwagala. Nʼamugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna byʼolina, ensimbi zʼonoggyamu ozigabire abaavu, oliba nʼobugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.” Bwe yawulira ebigambo ebyo nʼanyiikaala, nʼagenda ngʼanakuwadde, kubanga yali mugagga nnyo.
”Yesu nʼamutunuulira ngʼagenda, nʼalyoka akyukira abayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Nga kizibu nnyo abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!” Kino ne kibeewuunyisa nnyo. Yesu nʼayongera nʼabagamba nti, “Abaana abaagalwa, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo yʼempiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” Ne beewuunya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Olwo kale ani ayinza okulokolebwa!” Yesu nʼabatunuulira enkaliriza nʼabagamba nti, “Eri abantu tekisoboka nʼakatono. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”
”Awo Peetero nʼagamba Yesu nti, “Tweresa byonna ne tukugoberera.” Yesu nʼamuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu nʼomu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ngʼamaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka nʼamayumba olwʼokunjagala nʼokubuulira Enjiri, ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu nʼokuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo.
”Bwe baatuuka mu Yerusaalemi nʼayingira mu Yeekaalu, nʼatandika okugobamu abaali batundiramu nʼabaali baguliramu, nʼavuunika emmeeza zʼabaali bawaanyisa ensimbi, nʼavuunika nʼentebe zʼabatunzi bʼamayiba. Era nʼataganya muntu kuyisa kintu kyonna. Nʼabayigiriza ngʼagamba nti, “Tekyawandiikabwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabiramu amawanga?’ Naye mmwe mugifudde mpuku yʼabanyazi.”
”Awo ne bajja gyʼali ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ngʼoyogera mazima era tolina gwʼotya. Toffaayo ku nfaanana yʼabantu, wabula amazima ameereere, era oyigiriza ekkubo lya Katonda. Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tetugumuwa?” Naye Yesu nʼategeera obunnanfuusi bwabwe nʼabagamba nti, “Lwaki munkema. Mundeetere ensimbi ngirabe.” Ne bagimuleetera, nʼababuuza nti, “Ekifaananyi kino nʼebiwandiiko ebiri ku nsimbi kuno byʼani?” Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” Nʼabagamba nti “Kale ebintu bya Kayisaali mubiwenga Kayisaali nʼebya Katonda, mubiwenga Katonda!” Ne bamwewuunya nnyo.
”Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika lyʼensimbi, nʼalaba engeri ekibiina kyʼabantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi. Awo nnamwandu eyali omwavu nʼajja nʼateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante. Yesu nʼayita abayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika. Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna kyʼabadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna.”
”Mu kiseera ekyo Yesu ngʼali Besaniya mu nnyumba yʼomusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ngʼatudde, omukazi nʼayingira ngʼalina eccupa, eyalimu amafuta agʼakaloosa agʼomuwendo omungi. Nʼayasa eccupa nʼasiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu. Abamu ku abo abaaliwo ne basunguwalira nnyo ekikolwa ekyo, nga beebuuza nti, “Amafuta ago gafudde ki? Wakiri singa gatundiddwa dinaali ezisukka mu bikumi ebisatu, ne ziweebwa abaavu!” Ne bamwemulugunyiza. Naye Yesu nʼabagamba nti, “Omukazi mumuleke. Lwaki mumuteganya? Ankoledde ekikolwa kirungi. Abaavu muli nabo bulijjo, era muyinza okubakolera obulungi buli we mwagalidde, naye Nze sijja kubeera nammwe bulijjo.
”Bakabona abakulu bwe baakiwulira ne bajjula essanyu, ne bamusuubiza okumuwa ensimbi. Bwʼatyo Yuda nʼatandika okunoonyereza engeri entuufu wʼanaaweerayo Yesu.
”Yokaana nʼabaddamu ngʼagamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, nʼoyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”
”Awo abasolooza bʼomusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?” Yokaana nʼabaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.” Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?” Yokaana nʼabagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, nʼempeera ebaweebwa ebamalenga.”
”Awo Yesu nʼatunuulira abayigirizwa be enkaliriza nʼagamba nti, “Mulina omukisa abaavu, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe. Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano, kubanga mulikkusibwa. Mulina omukisa abakaaba kaakano, kubanga muliseka.
”Naye zibasanze mmwe abagagga, kubanga mufunye essanyu lyammwe erijjuvu. Zibasanze mmwe abalya ne mukkuta kaakano, kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kaakano, kubanga mulikungubaga, ne mukaaba.
”“Omuntu bwʼakukubanga oluyi ku luba olumu, omukyusizanga nʼakukuba ne ku lwokubiri! Omuntu bwʼakunyagangako ekkooti yo, nʼessaati yo ogimulekeranga. Omuntu yenna akusabanga omuwanga; era nʼoyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga kubikuddizza.
”“Bwe munaayagalanga abo ababaagala bokka, munaagasibwa ki? Kubanga nʼabakozi bʼebibi bwe beeyisa bwe batyo. Bwe munaayisanga obulungi abo bokka ababayisa obulungi, munaagasibwa ki? Kubanga nʼabakozi bʼebibi bwe bakola bwe batyo.
”Bwe munaawolanga abo bokka be musuubira okubasasula mmwe, munaagasibwangamu ki? Kubanga nʼabakozi bʼebibi bawola bakozi ba bibi bannaabwe, basobole okusasulwa omuwendo gwe gumu. Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe! Mubayisenga bulungi! Muwolenga nga temusuubira kusasulwa magoba. Bwʼetyo empeera yammwe eriba nnene era muliba baana bʼoyo Ali Waggulu Ennyo. Kubanga wa kisa eri abatasiima nʼabakozi bʼebibi.
”Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, ekyʼomuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa.”
”Yesu nʼamuddamu nti, “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ngʼaserengeta e Yeriko, nʼagwa mu banyazi, ne bamukwata ne bamwambulamu engoye ze ne bazimutwalako, ne bamukuba nnyo, ne bamuleka awo ku kkubo ngʼabulako katono okufa.
”Enkeera Omusamaliya nʼaddira ddinaali bbiri nʼaziwa nannyini nnyumba. Nʼamugamba nti, ‘Nkusaba omujjanjabe, era ensimbi ezizo zonna zʼolikozesa nga zino ze nkulekedde ziweddewo, ndizikuddizaawo nga nkomyewo.’ ”
”Otuwenga buli lunaku emmere yaffe eyʼolunaku.
”Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”
”Naye singa munaddira ebiri munda ne mubiwaayo ngʼekiweebwayo, olwo buli kintu kinaaba kirongoofu eri Katonda. “Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga mwegendereza ne muwaayo ekimu ekyʼekkumi kyonna kye mufuna, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mutassaayo mwoyo ku bwenkanya nʼokwagala Katonda. Kirungi okukola ebyo byonna, naye era nʼebirala temusaanye kubiragajjalira.
”Awo omuntu omu mu kibiina nʼavaayo nʼagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku byʼobusika bwaffe.” Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Owange, ani eyanfuula omulamuzi wammwe oba owʼokubamaliranga empaka zammwe?” Nʼabagamba nti, “Mwekuume! Temululunkananga. Kubanga obulamu bwʼomuntu tebugererwa ku bugagga bwʼabeera nabwo.”
”Awo nʼabagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja omugagga eyalina ennimiro nʼabaza ebibala bingi. Nʼalowooza munda mu ye ngʼagamba nti, ‘Nnaakola ntya? Kubanga sirina we nnaakuŋŋaanyiza bibala byange?’ “Kwe kugamba nti, ‘Ntegedde kye nnaakola, nzija kumenyawo amawanika gange gano, nzimbewo agasingako obunene! Omwo mwe nnaakuŋŋaanyiza ebibala byange byonna nʼebintu byange. Era nzija kugamba emmeeme yange nti, “Emmeeme, weeterekedde bingi mu mawanika go okukuyisa mu myaka mingi egijja. Wummula, olye, onywe era weesanyuse!” ’ “Naye Katonda nʼamugamba nti, ‘Musirusiru ggwe! Ekiro kino emmeeme yo eneekuggibwako. Kale ebyo bye weetegekedde binaaba byʼani?’ “Bwe kityo bwe kiriba eri buli muntu eyeeterekera, so nga mwavu eri Katonda.”
”Awo Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Noolwekyo temweraliikiriranga lwa bulamu bwammwe oba mmere gye munaalya oba engoye ezʼokwambala. Kubanga omwoyo gusinga wala emmere nʼomubiri gusinga ebyokwambala. Mulowooze ku namuŋŋoona, tezisiga so tezikungula, era tezirina na mawanika mwe zitereka mmere yaazo, naye Katonda aziriisa. Naye mmwe muli ba muwendo nnyo okukira ennyonyi ezo! Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongera ku myaka gye akatundu nʼakamu? Obanga temusobola kukola kantu katono ngʼako, kale kikugasa ki okweraliikirira ebintu ebirala? “Mutunuulire amalanga bwe gakula! Tegategana wadde okulanga ewuzi zʼengoye, naye mbategeeza nti Ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. Kale, obanga Katonda ayambaza bwʼatyo omuddo ogwʼomu nsiko, omuddo obuddo ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, naye ate talisingawo nnyo okwambaza mmwe abʼokukkiriza okutono! Temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga nʼakatono. Kubanga ebintu ebyo byonna amawanga ge biyaayaanira, naye Kitammwe amanyi nga mubyetaaga. Naye munoonye obwakabaka bwe, nʼebintu ebyo mulibyongerwako.
”Mutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gyʼatasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera.
”Kubanga obugagga bwammwe gye buli, nʼomutima gwammwe gye gunaabeeranga.
”Awo Yesu nʼakyukira eyamuyita nʼamugamba nti, “Bwʼotegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde abʼolulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bwʼokola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ngʼabakusasula. Naye bwʼofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, nʼabagongobavu, nʼabalema ne bamuzibe. Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kwʼAbatuukirivu.”
”Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna byʼalina, tayinza kuba muyigirizwa wange.
”“Oba mukazi ki alina ennoso ze kkumi, emu nʼemubulako, atakoleeza ttaala nʼanoonya mu buli kasonda konna akʼennyumba, nʼayera nʼebuziizi yenna okutuusa lwʼagiraba? Bwʼagiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be nʼabagamba nti, ‘Munsanyukireko, ennoso yange eyabadde ebuze ngirabye.’ Mbategeeza nti Mu ngeri yʼemu omukozi wʼebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”
”Awo Yesu nʼabagamba nti, “Waaliwo omusajja eyalina batabani be babiri. Omuto nʼagamba kitaawe nti, ‘Kitange, nkusaba ompe omugabo gwange ku bintu byo ogunsaanidde.’ Kitaawe nʼabagabanyiza ebintu byabwe. “Waayitawo ennaku ntono, omwana omuto nʼasibako ebintu bye byonna ne yeetambulira, nʼagenda mu nsi eyʼewala. Bwe yatuuka eyo nʼasaasaanya ebintu bye ne yeemalira mu binyumu. Mu kiseera ekyo we yamalirawo ebintu bye byonna, nʼenjala nnyingi we yagwira mu nsi omwo mwe yali, nʼasiibanga era nʼasulanga enjala. Nʼagenda abeere ewʼomwami omu owʼomu nsi omwo nʼamusaba amuwe omulimu, nʼamusindika gye yalundiranga embizzi azirabirirenga. Omulenzi ne yeegombanga okulyanga ebikuta byʼembizzi, naye ne watabaawo amuwa kantu konna. “Naye bwe yeddamu nʼagamba nti, ‘Eka ewaffe, abasajja abapakasi aba kitange bafuna emmere nnyingi ne balya ne balemwa, naye nze ndi wano nfiira wano enjala! Nnaagenda eri kitange, mugambe nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go, era sikyasaanira na kuyitibwa mwana wo. Nfunira omulimu mbeere ngʼabapakasi bo.’ “Bwʼatyo nʼasitula nʼaddayo ewa kitaawe. Naye bwe yali ngʼakyaliko wala nʼawaka, kitaawe nʼamulengera ngʼajja, nʼamusaasira nnyo. Kitaawe ngʼajjudde amaziga nʼamusisinkana, nʼamugwa mu kifuba nʼamunywegera. Omwana nʼagamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’ “Naye kitaawe nʼalagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze nʼengatto! Era mugende mutte ennyana eya ssava. Tufumbe embaga nnene tujaguze. Kubanga mutabani wange ono yali afudde kaakano mulamu, yali azaaye laba wuuno azaawuse.’ Embaga nʼetandika.
”Awo Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Waaliwo omusajja omugagga ngʼalina omuwanika we amulabiririra ebintu bye. Ne wabaawo abaamuloopera nti Omuwanika oyo yali asaasaanya ebintu bye, ngʼabidiibuuda. Mukama we nʼamuyita nʼamubuuza nti, ‘Biki ebyo bye nkuwulirako? Kale genda otegeke lipoota yʼebintu byange nga bwe biri ogindeetere. Omulimu gukufudde.’ “Omuwanika nʼalowooza mu mutima gwe, nga yeebuuza nti, ‘Kale kaakano nkole ntya? Mukama wange wuuno angoba ku mulimu. Sirina maanyi galima, nʼokusabiriza kunkwasa ensonyi. Ekinaasobozesa abantu okunsembeza mu maka gaabwe, nga bwe ngobeddwa ku mulimu, nkifunye.’ “Nʼagenda ngʼayita buli eyalina ebbanja ku mukama we. Gwe yasookerako nʼamubuuza nti, ‘Ebbanja mukama wange lyʼakubanja lyenkana wa obunene?’ ” “Omusajja nʼaddamu nti, ‘Ammanja endebe zʼomuzigo kikumi mu ataano.’ Omuwanika nʼamugamba nti, ‘Kwako empapula zo kwʼobanjirwa ogende owandiike endebe amakumi ataano.’ “Omuwanika nʼadda ku wookubiri nʼamubuuza nti, ‘Ggwe obanjibwa ki?’ “Nʼaddamu nti, ‘Ebigera byʼobuwunga bwʼeŋŋaano kikumi.’ ” “Omuwanika nʼamugamba nti, ‘Kwako empapula zo kwʼobanjirwa, owandiike endala osseeko ebigera kinaana.’ “Mukama we nʼatenda nnyo omuwanika we atali mwesigwa olwʼobukalabakalaba bwe. Kubanga abaana bʼomulembe guno bagezigezi okusinga abaana bʼomusana abʼomu mulembe gwabwe.” “Era mbategeeza nti mwefunire emikwano mu bugagga obutali butuukirivu, bwe buliggwaawo balyoke babasembeze mu weema ezitaggwaawo.
”Omuntu omwesigwa mu kintu ekitono, abeera mwesigwa ne mu kinene; nʼoyo ataba mwesigwa mu kitono era ne mu kinene taba mwesigwa. Kale obanga temwesigibwa mu bugagga obutali butuukirivu, ani agenda okubeesiga mu bugagga obwʼamazima? Obanga toli mwesigwa ku byʼomulala, kale ani alikwesiga nʼakukwasa ebibyo?
”“Tewali muddu ayinza kuweereza bakulu babiri. Kubanga alikyawako omu nʼayagala omulala, oba aliwulirako omu nʼanyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.” Awo Abafalisaayo, abaali abaluvu bʼensimbi, bwe baawulira ebigambo ebyo ne banyooma Yesu.
”Awo Yesu nʼabagamba nti, “Waaliwo omusajja omugagga ennyo, eyayambalanga engoye ezʼeffulungu ne linena era bulijjo ngʼabeera mu masanyu era ngʼalya ebyassava. Waaliwo nʼomusajja omwavu erinnya lye nga ye Laazaalo nga mulwadde ngʼajjudde amabwa ku mubiri gwe, eyateekebwanga ku mulyango gwʼomusajja omugagga. Laazaalo ne yeegombanga okulya obukunkumuka obwagwanga wansi nga buva ku mmeeza ya nnaggagga. Nʼembwa zajjanga ne zikomberera amabwa ga Laazaalo. “Ekiseera kyatuuka omusajja omwavu nʼafa, bamalayika ne bamutwala mu kifuba kya Ibulayimu. Oluvannyuma nʼomugagga naye nʼafa, nʼaziikibwa. Naye ngʼali eyo mu magombe mu kubonaabona, nʼatunula waggulu nʼalaba Laazaalo ngʼali mu kifuba kya Ibulayimu. Nʼakoowoola nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!’ “Naye Ibulayimu nʼamuddamu nti, ‘Mwana wange, jjukira nga mu biseera byo ngʼokyali mulamu wafuna ebirungi bye weetaaganga, naye nga Laazaalo ye afuna bibi. Kaakano Laazaalo asanyusibwa naye gwe oli mu kubonaabona. Ate nʼekirala, wakati waffe nammwe waliwo olukonko luwanvu nnyo olutwawula, omuntu ali eno bwʼayagala okujja eyo akoma awo ku mugo gwalwo, nʼoyo ali eyo ayagala okujja eno tasobola.’ “Awo nnaggagga nʼayaziirana nti, ‘Ayi kitange Ibulayimu, nkwegayiridde ntumira Laazaalo oyo mu maka ga kitange, kubanga nninayo abooluganda bataano, abandabulire, bwe balifa baleme kujja mu kifo kino ekirimu okubonaabona okwenkanidde wano.’ Naye Ibulayimu nʼamugamba nti, ‘Balina Musa ne bannabbi, kale bawulire abo.’ “Omugagga nʼaddamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ngʼava mu bafu, bajja kwenenya.’ “Awo Ibulayimu nʼamugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’ ”
”Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya.
”Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, era mpaayo eri Katonda, ekimu ekyʼekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’
”Yesu bwe yawulira ebyo, nʼamugamba nti, “Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi zʼonoggyamu ozigabire abaavu, olibeera nʼobugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.” Naye bwe yawulira ebigambo ebyo nʼagenda ngʼanakuwadde nnyo, kubanga yali mugagga nnyo.
”Yesu bwe yamulaba ngʼanakuwadde nnyo, nʼayogera nti, “Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo yʼempiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?” Yesu nʼaddamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”
”Peetero nʼamugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!” Yesu nʼaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Teri muntu nʼomu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olwʼobwakabaka bwa Katonda, atalifuna mirundi mingi nʼokusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.”
”Awo Zaakayo nʼayimirira nʼagamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”
”Nʼabagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi eyʼewala alye obwakabaka alyoke akomewo. Bwe yali asitula nʼayita abaddu be kkumi nʼabalekera mina kkumi nʼabagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’ “Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’ “Naye nʼafuulibwa kabaka, nʼaddayo mu kitundu kyʼewaabwe. Bwe yatuuka nʼayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu. “Eyasooka nʼajja nʼagamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’ “Mukama we nʼamwebaza, nʼamugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’ “Omuddu owookubiri nʼajja, nʼagamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’ “Oyo naye nʼamugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’ “Awo omuddu omulala nʼajja, nʼagamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi. Nakutya, kuba, nga bwʼoli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, nʼokungula nʼebibala byʼotaasiga.’ “Mukama we nʼamuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ngʼebigambo byo byʼoyogedde bwe biri. Wamanya nga Ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga, kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde nʼamagoba?’ “Nʼalyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’ “Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’ “Nʼabaddamu nti, ‘Mbagamba nti Abo abalina, be balyeyongera okuweebwa; ate abo abatalina, nʼakatono ke balina kalibaggibwako.
”Awo Yesu nʼayingira mu Yeekaalu nʼagobamu abaali batundiramu. Nʼabagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga ya kusinzizangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku yʼabanyazi.’”
”Kyetuva tukubuuza nti Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?” Yesu nʼategeera mangu obukuusa bwabwe, nʼabagamba nti, “Mundage ensimbi eya ffeeza. Ekifaananyi kino ekiriko kyʼani? Nʼerinnya lino lyʼani?” Ne baddamu nti, “Bya Kayisaali.” Nʼabagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, nʼebya Katonda mubiwe Katonda.”
”Awo Yesu bwe yayimusa amaaso nʼalaba abantu abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika mu Yeekaalu. Nʼalaba nnamwandu omwavu ngʼawaayo busente bubiri. Nʼagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Nnamwandu oyo omwavu agabye okusinga bali abagagga bonna. Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku nsimbi ze bateetaaga, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna kyʼalina.”
”Nʼasanga mu Yeekaalu abaali batunda ente nʼendiga nʼamayiba era nʼabali bawaanyisa ensimbi. Awo Yesu nʼaddira emiguwa nʼagifunyaafunya ne giba ngʼembooko nʼagobawo endiga nʼente, nʼasaasaanya nʼensimbi ezʼabaali bawaanyisa, nʼavuunika nʼemmeeza zaabwe. Nʼakyukira abaali batunda amayiba nʼabagamba nti, “Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale.” Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, “Obuggya bwʼEnnyumba yo, Ayi Mukama, bulindya.”
”Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana wʼOmuntu gyʼalibawa, kubanga Kitaawe wʼOmwana amussizaako akabonero.”
”Yesu nʼabaddamu nti, “Nze mmere eyʼobulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta.
”Omubbi kyʼajjirira kwe kubba nʼokutta nʼokuzikiriza. Nze najja, zibe nʼobulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu. “Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olwʼendiga.
”Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali owʼokumulyamu olukwe, nʼagamba nti, “Lwaki amafuta ago tegatundiddwamu eddinaali ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?” Yayogera bwʼatyo si lwa kuba nti Yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo yʼensimbi. Yesu nʼalyoka abagamba nti, “Omukazi mumuleke, akoze ekyo lwa kunteekerateekera kuziikibwa kwange. Abaavu muli nabo bulijjo, naye Nze sijja kuba nammwe bulijjo.”
”Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange. Kino mubadde temukikola, naye kaakano mukitandike. Musabe mu linnya lyange, mujja kuweebwa ekyo kye musaba, essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
”Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna. Ebyʼobugagga byabwe nʼebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ngʼokwetaaga kwe bwe kwabanga. Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe nʼessanyu lingi nʼomutima ogutalina bukuusa,
”Naye Peetero nʼagamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!”
”Abakkiriza bonna baalina omwoyo gumu nʼomutima gumu; nga tewali agamba nti Kino kye nnina kyange ku bwange, wazira nga bonna bagabanira wamu. Awo abatume ne babuulira nnyo nʼamaanyi mangi ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna ne bajjula ekisa kingi. Mu bo temwali baali mu kwetaaga, kubanga abo abaalina ettaka oba amayumba, baabitundanga, ensimbi ezivudde mu bye batunze ne bazireeta ku bigere byʼabatume bagabireko buli muntu ngʼokwetaaga kwe bwe kwalinga.
”Awo Yusufu, Omuleevi abatume gwe baatuuma Balunabba (amakulu gaalyo nti Atereeza emitima gyʼabantu) eyazaalibwa e Kupulo, nʼatunda ennimiro ye, ensimbi ezaavaamu nʼazireeta ku bigere byʼabatume.
”Waaliwo omusajja erinnya lye Ananiya ne mukyala we Safira, nʼatunda ebibye ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ngʼamanyi, nʼaleetako kitundu butundu nʼakiteeka ku bigere byʼabatume. Naye Peetero nʼagamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, nʼokulimba nʼolimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gwʼennimiro? Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.”
”Simooni, Omufumu, bwe yalaba ngʼabantu bafunye Mwoyo Mutukuvu olwʼabatume okubassaako emikono kyokka, kyeyava atoola ensimbi aziwe abatume bamuguze obuyinza obwo. Nʼabagamba nti, “Mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono gyange afune Mwoyo Mutukuvu!” Naye Peetero nʼamugamba nti, “Ensimbi zo zizikirire naawe olwʼokulowooza nti Ekirabo kya Katonda kiyinza okugulibwa obugulibwa nʼensimbi.
”Awo abayigirizwa ne bamalirira okuweereza obuyambi eri abooluganda abaali mu Buyudaaya, buli muntu nga yeesonda nga bwe yasobola,
”Siyaayaaniranga ffeeza newaakubadde zaabu wadde engoye ebyʼomuntu nʼomu. Mmwe bennyini mumanyi nti neetuusizaako ebyetaago byange nʼebyʼabo bendi nabo. Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola nʼamaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate nʼokujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”
”Kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki toyinza kweyigiriza wekka? Ategeeza abalala obutabba, tobba?
”“Noolwekyo omulabe wo bwʼalumwanga enjala, muliisenga; bwʼalumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bwʼokola bwʼotyo olimukumira amanda gʼomuliro ku mutwe gwe.”
”Era kyemuva muwa omusolo kubanga abakozi abo baweereza ba Katonda nga banyiikirira emirimu gyabwe. Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, nʼowʼempooza mumuwenga empooza; nʼoyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, nʼoyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa. Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ngʼatuukiriza amateeka. Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” nʼetteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”
”Oba temumanyi ngʼabatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ngʼabakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga, newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
”Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.
”Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba abʼEkkanisa zʼe Ggalatiya. Buli omu ku mmwe ngʼasinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako kyʼatereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize.
”Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya ebyʼebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe.
”Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.
”Kubanga tumanyi ngʼennyumba yaffe eyʼensiisira eyʼoku nsi bwʼerisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, eyʼolubeerera eyʼomu ggulu.
”Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira. Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu. Ate era kye twali tutasuubidde, baasooka kwewaayo eri Mukama, nʼoluvannyuma gye tuli olwʼokwagala kwa Katonda.
”Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.
”Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bwʼalina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo kyʼalina so si kyʼatalina. Abalala baleme kuyambibwa ate nga mmwe munyigirizibwa, walyoke wabeewo, okwenkanankana. Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga. Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, nʼeyakuŋŋaanyanga entono ngʼemumala bumazi.”
”Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okubagumya abooluganda, bano babasookeyo, bateeketeeke ekirabo kye mwasuubiza, ekirabo ekyo kitegekebwe kibeere omukisa so si ekintu ekyʼokuwalirizibwa.
”Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.” Buli omu akola nga bwʼasazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olwʼokuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba nʼessanyu. Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga nʼebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yasaasaanya, yagabira abaavu. Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.”
”Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate nʼamuwa nʼemmere eyʼokulya, anaayazanga ensigo yammwe era nʼagyongerako, era anaayongeranga ebibala ebyʼobutuukirivu. Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe. Kubanga omulimu gwʼobuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda. Olwʼobukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olwʼokugonda okwʼokwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, nʼeri abantu bonna,
”Kye baatusaba kyokka tujjukirenga abaavu, ate ngʼekyo kye nnali nesunga okukola.
”Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.”
”Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu kyʼasiga era kyʼalikungula. Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo. Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi. Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala abʼomu nnyumba eyʼokukkiriza.
”Newaakubadde nga nze nsembayo wansi mu batukuvu bonna, naweebwa ekisa ekyo, okubuulira Abaamawanga emikisa egiri mu Kristo egitageraageraganyizika.
”Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola ebyʼomugaso ngʼakola nʼemikono gye, alyoke afune kyʼagabirako nʼabo abeetaaga.
”nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ngʼafaayo ne ku byʼabalala.
”Naye ebyo byonna ebyali omugabo gye ndi, nabiraba nga butaliimu. Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ngʼokufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ngʼebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo,
”Soogera kino olwokubanga Ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nayiga okumalibwanga. Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba nʼebingi ne mu bwetaavu. Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi. Kyokka mukola bulungi okulumirirwa awamu nange mu kubonaabona kwange. Mmwe, Abafiripi, mumanyi nti bwe nava e Makedoniya nga nakatandika okubuulira Enjiri, tewali Kkanisa nʼemu eyampaayo akantu olwʼebyo bye yafuna okuggyako mmwe mwekka. Kubanga ddala ddala bwe nnali mu Sessaloniika mwampeereza emirundi ebiri. Soogera kino lwa kubanga njagala okufuna ekirabo, wabula kye njagala kwe kulaba ngʼekibala kyeyongera ku lwammwe. Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, kino kisinzidde mu ebyo bye mwampeereza, Epafuladito bye yandeetera. Biri ngʼakaloosa akalungi ennyo aka ssaddaaka esanyusa era esiimibwa Katonda. Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ngʼobugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.
”Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi,
”Musanyukenga ennaku zonna. Musabenga obutayosa. Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda kyʼabaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu.
”Era ne bwe twali gye muli eyo, twabakuutira nti Omuntu yenna bwʼagaananga okukola emirimu, nʼokulya talyanga.
”Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu nʼamayinja agʼomuwendo, wadde okwambala engoye ezʼomuwendo ennyo.
”Naye omuntu yenna bwʼatalabirira bantu be, na ddala abʼomu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
”Weewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bwʼamalibwa mu ekyo kyʼalina. Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu. Naye bwe tuba nʼemmere, nʼebyokwambala ebyo bitumalenga. Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego akʼokwegomba okwʼobusirusiru era okwʼakabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira. Kubanga okululunkanira ensimbi yʼensibuko yʼebibi byonna, era olwʼokululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.
”Okuutirenga abagagga abʼomu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olwʼokwesanyusanga,
”Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda,
”Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa ngʼomuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, nga si wa busungu, nga si mutamiivu, nga si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa
”Merukizeddeeki yali kabaka wʼe Ssaalemi, era yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Ibulayimu bwe yali ngʼava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Merukizeddeeki nʼamusisinkana, nʼamusabira omukisa. Ne Ibulayimu nʼawa Merukizeddeeki ekitundu ekyʼekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Merukizeddeeki litegeeza nti Kabaka owʼObutuukirivu. Ate era litegeeza kabaka wʼe Ssaalemi ekitegeeza nti ye kabaka owʼemirembe. Merukizeddeeki taliiko kitaawe oba nnyina. Ennaku ze teziriiko ntandikwa wadde enkomerero, era nʼobulamu bwe tebukoma. Asigala kabona emirembe gyonna, ngʼOmwana wa Katonda. Kale mulabe Merukizeddeeki oyo nga bwe yali omukulu! Ibulayimu jjajjaffe yamuwa ekimu ekyʼekkumi ekya byonna bye yanyaga. Nʼabo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu ekyʼekkumi ngʼetteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe. Naye oyo ataabalibwa mu kika kyabwe, yafuna ekimu ekyʼekkumi okuva eri Ibulayimu, Merukizeddeeki nʼasabira omukisa oyo eyalina ebyasuubizibwa. Tewali kubuusabuusa omukulu yʼasabira omuto omukisa. Mu ngeri emu, ekimu ekyʼekkumi kiweebwa eri abantu abafa, naye mu ngeri endala, kiweebwa eri oyo akakasibwa nga mulamu. Noolwekyo ka tugambe nti okuyita mu Ibulayimu, ne Leevi aweebwa ekimu ekyʼekkumi, naye yawaayo ekimu ekyʼekkumi. Yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana.
”Olwʼokukkiriza Musa ngʼakuze, yagaana okuyitibwa omwana wʼomumbejja wa Falaawo nʼalondawo okubonaabonera awamu nʼabantu ba Katonda nʼagaana okuba mu ssanyu eryʼekibi eriggwaawo amangu. Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bwʼe Misiri, kubanga yali asuubira empeera.
”Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti, “Sirikuleka era sirikwabulira nʼakatono.”
”Temwerabiranga kukola bulungi nʼokugabananga; kubanga ssaddaaka eziri ngʼezo Katonda zimusanyusa.
”Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa. Nʼomugagga tasaana anyiige ngʼebintu bye bimukendezebbwaako, kubanga naye aliggwaawo ngʼekimuli ekyʼomuddo bwe kiggweerera. Kubanga enjuba bwʼevaayo nʼeyaka nʼebbugumu lyayo eringi, omuddo gukala nʼekimuli kyagwo ne kiwotoka ne kigwa, nʼobulungi bwʼendabika yaakyo ne buggwaawo; nʼomugagga bwʼatyo bwʼaliggwaawo, ngʼali mu mirimu gye.
”Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda ebyʼomu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala.
”Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ngʼayambadde engoye ezʼomuwendo omunene, ngʼanaanise nʼempeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo nʼomusajja omwavu ngʼali mu ngoye ezisensusesensuse, ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti Ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi wʼakatebe kwe nteeka ebigere byange,” kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi? Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi bʼeyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika abʼobwakabaka obwʼomu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala? Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga zʼamateeka? Era si be banyoomoola erinnya eddungi lye muyitibwa?
”Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”
”Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti Mulina okukkiriza kyokka ngʼokukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ngʼokukkiriza ngʼokwo kugenda kubalokola? Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, naye omu ku mmwe nʼamugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? Noolwekyo nʼokukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.
”Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.
”Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.” Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ngʼolufu olulabika ate mangwago ne lubula. Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bwʼanaaba ngʼasiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.”
”Kale, mmwe abagagga, mukaabe era mwaziirane. Mugenda kujjirwa ennaku. Ebyʼobugagga byammwe bivunze, nʼebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwa byo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ngʼomuliro. Mweterekera obugagga olwʼennaku ezʼoluvannyuma.
”Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, nʼabaakungula bakungubaga, era amaloboozi gʼokwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama owʼEggye. Mwesanyusiza ku nsi ne mwejalabya mu bugagga bwammwe. Mwagezza emitima gyammwe nga muli ngʼabeetegekera olunaku olwʼokubaagirako ebyassava.
”Kubanga okugezesebwa kwʼokukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro nʼekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo nʼekitiibwa nʼokugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lwʼalirabikirako.
”Kubanga mumanyi nti Mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu.
”Okweyonja kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu: nga mu misono gyʼenviiri nʼegyʼamajjolobera agʼebyo ebyambalwa mu bulago ne ku matu, nʼegyʼebyambalo. Naye kube kwa mu mutima munda; okweyonja okutayonooneka okwʼomwoyo omuwombeefu era omuteefu, era okwo kwe kwʼomuwendo ennyo mu maaso ga Katonda.
”Temwagalanga nsi, wadde ebyʼensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe. Kubanga buli ekyʼensi: okwegomba kwʼomubiri, nʼokwegomba kwʼamaaso, nʼokwekuluntaza okwʼobulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi. Ensi nʼokwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda byʼayagala abeerera emirembe gyonna.
”Buli alina ebintu ebyʼomu nsi nʼalaba muganda we nga yeetaaga, naye nʼabulwako kyʼamuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye? Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.
”Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange. Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso nʼotomanya ngʼoli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe wʼamaaso era ali obwereere. Nkuwa amagezi onguleko ebya zaabu, eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale. Era onguleko ebyambalo ebyeru, obyambale, owone ensonyi ezʼokuyita obwereere; onguleko nʼomuzigo osiige ku maaso go, osobole okulaba.
”Ne mpulira eddoboozi eryawulikika ngʼeriva wakati wʼebiramu ebina nga ligamba nti, “Omugaati gumu gugula ddinaali, ne kilo yʼobuwunga bwa sayiri nayo bwʼeba egula, kyokka omuzigo ne wayini tobyonoona.”
”Bakabaka bʼensi, nʼabafuzi abʼoku ntikko nʼabantu abagagga, nʼabakulu bʼamaggye nʼabʼamaanyi, na buli muddu nʼowʼeddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi zʼensozi. Ne bagamba ensozi nti, “Mutugweko mutukweke mu maaso gʼOyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, ne mu busungu bwʼOmwana gwʼEndiga.
”Awo ekisolo ne kiragira bonna, abakulu nʼabato, abagagga nʼabaavu, abʼeddembe nʼabaddu, bateekebweko akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi, nga tewali nʼomu akkirizibwa okugula oba okutunda ekintu kyonna, nga talina kabonero akʼerinnya lyʼekisolo ekyo oba ennamba yaakyo.
”“Abasuubuzi bʼomu nsi balimukaabira nga bamukungubagira kubanga nga tewakyali abagulako byamaguzi byabwe. Ebyamaguzi ebya zaabu, nʼebya ffeeza, nʼebyʼamayinja agʼomuwendo, ne luulu, nʼebyʼengoye eza linena, nʼeza kakobe, nʼeza liiri, nʼemyufu era na buli muti gwonna ogwa kaloosa, nʼebintu ebyʼamasanga, na buli kika ekyʼemiti egyʼomuwendo ennyo, nʼebikomo, nʼebyuma awamu nʼamayinja aga mabbo; nʼebyakaloosa, nʼebinzaali, nʼobubaane, nʼomuzigo gwʼomugavu, ne wayini, nʼamafuta, nʼobuwunga bwʼeŋŋaano obulungi; nʼente, nʼendiga; nʼembalaasi, nʼamagaali; nʼabaddu nʼemyoyo gyabwe. “Ekibala emmeeme yo kye yeegombanga, tekyakirina, byonna ebyʼomuwendo omungi nʼebyʼokwejalabya tebikyali bibyo. Bikuvuddeko byonna so toliddayo kubirabako nate emirembe gyonna.”
”Bwe batyo abasuubuzi abaagaggawala olwʼokubaguza ebintu bino, baliyimirira wala nga nabo batya, olwʼokutya okubonaabona kwe, nʼokukaaba kwe, nʼokunakuwala kwe, nga bagamba nti, “Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu, ekifaanana ngʼomukazi ayambadde engoye eza linena omulungi, nʼeza kakobe, nʼemyufu, era ngʼataddemu ebyʼomu bulago ebya zaabu nʼamayinja agʼomuwendo omungi ne luulu. Mu ssaawa emu obugagga obwenkanaawo bwonna buzikiridde!” “Era abo bonna abalina emmeeri ezʼebyʼobusuubuzi awamu nʼabagoba baazo, nʼabo abazikolamu, baayimirira wala.
”Nʼaŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ezʼamazzi amalamu, agʼobuwa.
”Omwoyo nʼOmugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi agʼobulamu agʼobuwa.
”