27 – Obulumi

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Obulumi.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Kyokka mukyala we nʼamugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!” Naye ye nʼamuddamu nti, “Oyogera ngʼomu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?” Mu bino byonna Yobu teyayonoona na kamwa ke.

Tunyigirizibwa erudda nʼerudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka, nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe. Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe. Kale nno okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.

Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ngʼemibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe owʼomunda adda buggya bulijjo. Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okwʼekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa ekyʼamaanyi ekyʼemirembe nʼemirembe. Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 544 ebitundu

naye omuti ogwʼokumanya ekirungi nʼekibi ogwo togulyangako, kubanga lwʼoligulyako tolirema kufa.”

Nʼagamba omukazi nti, “Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ngʼoli lubuto, onoozaaliranga mu bulumi; musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga kyokka anaakufuganga.” Nʼagamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, nʼolya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako; ensi ekolimiddwa ku lulwo: mu ntuuyo zo mwʼonoofuniranga ekyokulya ennaku zonna ezʼobulamu bwo. Ensi eneekumerezanga amaggwa nʼamatovu, onoolyanga ebibala ebyʼomu nnimiro. Mu ntuuyo zo mwʼonoggyanga ekyokulya, okutuusa lwʼolidda mu ttaka mwe wava, kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mwʼolidda.”

Awo Mukama Katonda nʼayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona kwʼabantu bange abali mu Misiri. Mpulidde ebiwoobe byabwe olwʼabo ababatuntuza ngʼabaddu; era ntegedde okubonaabona kwabwe. Kyenvudde nzika, mbawonye effugabbi eryʼAbamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, yʼensi ekulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki; kaakano mwe muli Abakanani, nʼAbakiiti, nʼAbamoli, nʼAbaperezi, nʼAbakiivi nʼAbayebusi. Kale mpulidde okukaaba kwʼabaana ba Isirayiri, era ndabye ngʼAbamisiri bwe bababonyaabonya.

Mukama ajja kubalwanirira. Mmwe musirike busirisi.”

ngʼagamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe nʼobwegendereza, ne mukola ebyo byʼalaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde nʼemu, ngʼezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”

Bwe munaabajooganga ne bankaabira, nnaabawulirizanga.

Oweerezanga Mukama Katonda wo yekka, emmere yo nʼamazzi go ndyoke mbiwe omukisa. Ndiggyawo endwadde mu mmwe;

“Munnansi munnammwe bwʼanaayavuwalanga ngʼali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe.

“Ndibawa emirembe mu nsi ne mwebaka bulungi, so tewaabengawo anaabatiisatiisanga. Ebisolo ebikambwe ndibimalamu mu nsi yammwe, era temuubeerengamu ntalo.

era bwe munaanyoomoolanga ebiragiro byange ne mukyawa amateeka gange, ne mulemwa okutuukiriza ebiragiro byange ebyo byonna, bwe mutyo ne mutakuumanga ndagaano yange, kale, kino kye ndibakola: Ndibaleetera entiisa eza mangu ezʼembagirawo, nʼobulwadde obwʼolukonvuba obubalumya akasiiso nʼomusujja, ebiribaziba amaaso ne bibakamulamu obulamu. Era muliteganira bwereere okusimba ebibala byammwe, kubanga abalabe bammwe be balibirya. Ndibeefuukira, abalabe bammwe nʼokubawangula ne babawangula; abo ababakyawa banaabafuganga, ne mudduka nʼokudduka so nga tewali abagoba.

Ebintu ebyo byonna bwe binaakutuukangako nʼolaba ennaku nnyingi, olwo onookomangawo eri Mukama Katonda wo mu biseera ebyʼoluvannyuma, nʼomugonderanga. Kubanga Mukama Katonda wo ajjudde okusaasira, taakusuulirirenga wadde okukuzikiriza, oba okwerabira endagaano ye gye yakola ne bajjajjaabo gye yabalayiririra.

Mukama takkirizenga ndwadde yonna kukukwata. So taakuleeterenga ndwadde ezo ezʼakabi, ze wamanyanga, ezʼe Misiri, naye anaazireeteranga abo bonna abakukyawa.

Mu myaka gino gyonna amakumi ana, engatto zo tezaakukaddiwako nʼebigere byo tebyazimba. Noolwekyo osaana okitegeere mu mutima gwo nti, Ngʼomusajja bwʼakangavvula mutabani we, ne Mukama Katonda wo bwʼakukangavvula. “Onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo ngʼotambuliranga mu makubo ge, era ngʼomutya, ngʼomussaamu ekitiibwa.

Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ngʼabawa emmere nʼebyokwambala.

Mulabe, ku lunaku lwa leero nteeka mu maaso gammwe omukisa nʼekikolimo. Omukisa, bwe munaagonderanga amateeka ga Mukama Katonda wammwe ge mbalagira leero; ekikolimo, bwe mutaagonderenga mateeka ga Mukama Katonda wammwe, ne mukyamanga okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne mugobereranga bakatonda abalala be mwali mutamanyi.

Bwʼonoobanga ogenze okutabaala abalabe bo, nʼolaba embalaasi nʼamagaali nʼeggye eddene okukira eriryo, tobatyanga; kubanga Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi yʼe Misiri, anaabanga naawe.

Bwʼonoogonderanga Mukama Katonda wo nʼokwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza nʼakuteeka waggulu wʼamawanga gonna agʼoku nsi.

Ku lunaku lwa leero nkoowoola eggulu nʼensi nga be bajulirwa bange, ku mmwe, abategedde nga ntadde mu maaso gammwe, obulamu nʼokufa; nʼemikisa nʼebikolimo. Kale nno londawo obulamu, olyoke obeerenga mulamu, ggwe nʼezzadde lyo: ngʼoyagalanga Mukama Katonda wo, ngʼowuliranga eddoboozi lye, era nga weekwatira ddala ku ye. Kubanga Mukama bwe bulamu bwo nʼokuwangaala; alyoke akuwenga emyaka mingi mu nsi Mukama gye yalayirira okugiwa bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo.

Beera nʼamaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli wʼonoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga.”

Mukama Katonda yennyini yʼajjanga okukukulemberanga. Anaabanga naawe bulijjo, taakulekenga so taakwabulirenga. Totya so totekemuka.”

Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye! Tewali katonda mulala wabula Nze; nzita era ne nzuukiza, nfumita era ne mponya; era tewali atangira mukono gwange nga gukola.

Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gyʼonoogendanga.”

Yoswa nʼabagamba nti, “Temutya wadde okuterebuka, mube nʼamaanyi era nʼobuvumu kubanga eno yʼengeri Mukama gyʼanaakola abalabe bammwe be mulwana nabo.”

Mukama Katonda yʼaleeta okufa, era yʼawa obulamu; atwala emagombe ate nʼazuukiza. Mukama Katonda yʼayavuwaza era yʼagaggawaza; atoowaza ate nʼagulumiza. Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu; asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu yʼevvu; nʼabatuuza nʼabalangira, era ne basikira entebe eyʼekitiibwa. Kubanga emisingi gyʼensi gya Mukama Katonda, era okwo kwʼatuuzizza ensi.

Dawudi nʼazimbira Mukama ekyoto nʼawaayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo olwʼemirembe. Olwo Mukama Katonda nʼayanukula okusaba kwe ku lwʼensi, kawumpuli nʼava ku Isirayiri.

Mu biro ebyo Keezeekiya nʼalwala nʼabulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi nʼagenda gyʼali nʼamugamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.” Keezeekiya ne yeekyusa nʼatunuulira ekisenge, ne yeegayirira Mukama ngʼagamba nti, “Jjukira, Ayi Mukama Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa nʼomutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” Keezeekiya nʼakaaba nnyo. Awo Isaaya bwe yali nga tannava mu luggya olwa wakati, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze wʼabantu bange nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti: Mpulidde okusaba kwo, era nʼamaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya. Oluvannyuma lwʼennaku ssatu onooyambuka nʼolaga mu yeekaalu ya Mukama. Ndikwongerako emyaka emirala kkumi nʼettaano, era laba ndikulokola ggwe nʼekibuga kino mu mukono gwa kabaka wʼe Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lwʼomuddu wange Dawudi.’ ”

Erinnya lye ligulumizibwe, nʼemitima gyʼabo abanoonya Mukama gisanyuke. Mutunuulire Mukama nʼamaanyi ge; munoonye amaaso ge ennaku zonna. Mujjukire ebyewuunyo byʼakoze, nʼebyamagero bye, nʼensala ye eyʼemisango gyʼalangirira,

abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe. Era amaaso gange ganaazibukanga, nʼamatu gange ganaawuliranga esaala ezinaawebwangayo mu kifo kino.

Sennakeribu akozesa omukono ogwʼomubiri, naye ffe tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” Abantu ne baguma omwoyo olwʼebigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yayogera.

omubaka nʼajja eri Yobu nʼamugamba nti, “Ente zibadde zirima nga nʼendogoyi ziri kumpi nazo, Abaseba ne bazigwako ne bazitwala era nʼabaddu bonna ne babatta nze nsigaddewo nzekka okujja okukutegeeza bino.” Oyo aba akyayogera ebyo, laba, omubaka omulala nʼatuuka naye nʼamugamba nti, “Omuliro gubuubuuse nga guva mu ggulu ne gusaanyaawo endiga zonna nʼabasumba baazo, nze nsigaddewo nzekka okukutegeeza bino.” Nʼoyo aba akyayogera, nʼomubaka omulala nʼatuuka, nʼagamba nti, “Abakaludaaya bazze nga beetegese mu bibinja bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira ne bazitwala era ne batta nʼabaddu ababadde bazirabirira, era nze nzekka nze nsigaddewo okujja okukumanyisa bino.” Aba akyayogera, laba, nʼomulala nʼajja nʼamugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya mukulu waabwe, laba, omuyaga ogwʼamaanyi guvudde mu ddungu ne gugoyaagoya ennyumba yonna mwe babadde era bonna bafiiriddemu nze mponyeewo nzekka okujja okukubikira.” Yobu olwawulira bino byonna, nʼagolokoka nʼayuza ebyambalo bye nʼamwa omutwe gwe, nʼavuunama nʼasinza:

nʼagamba nti, “Nazaalibwa sirina kantu era bwe ntyo bwe ndiddayo. Mukama ye yawa era Mukama yʼaggyeewo, erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.”

Setaani nʼamuddamu nti, “Eddiba olwʼeddiba, omuntu kyaliva awaayo byonna byʼalina olwʼokuwonya obulamu bwe; naye golola omukono gwo okwate ku magumba ge nʼomubiri gwe olabe oba taakwegaane.” Mukama Katonda nʼamugamba nti, “Weewaawo, ali mu mukono gwo, kyokka mulekere obulamu bwe.” Awo Setaani nʼava awali Mukama Katonda, nʼalwaza Yobu amayute amazibu okuva ku mutwe, okutuukira ddala ku bigere. Yobu nʼatandika okweyaguzanga oluggyo ngʼeno bwʼatudde mu vvu.

Kyokka mukyala we nʼamugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!” Naye ye nʼamuddamu nti, “Oyogera ngʼomu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?” Mu bino byonna Yobu teyayonoona na kamwa ke.

Awo mikwano gya Yobu abasatu; Erifaazi Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi bwe baawulira emitawaana egyali gituuse ku mukwano gwabwe, ne bajja buli omu okuva ewuwe ne basisinkana nga bwe baali bateesezza, bagende bamusaasire bamuzzeemu amaanyi. Tebaamutegeererawo nga bakyali wala, olwʼembeera gye yalimu; ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakuba ebiwoobe ne bayuza ebyambalo byabwe ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe. Awo ne batuula naye we yali atudde okumala ennaku musanvu emisana nʼekiro nga tewali anyega, olwʼobulumi obungi Yobu bwe yalimu.

Alina omukisa omuntu Katonda gwʼabuulirira; noolwekyo tonyooma kukangavvula kwʼoyo Ayinzabyonna. Kubanga ye yʼafumita ate era yʼanyiga, yʼalumya era yʼawonya.

Kino kyandikkakkanyizza obulumi obutakoma kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu. Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe nʼessuubi? Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?

Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe tafaayo kutya Ayinzabyonna.

Omubiri gwange gujjudde envunyu nʼebikakampa, nʼolususu lwange lukutusekutuse era lulabika bubi.

Ajja kuddamu ajjuze akamwako enseko, nʼemimwa gyo amaloboozi agʼessanyu.

“Obulamu bwange mbukyayidde ddala, noolwekyo leka nfukumule okwemulugunya kwange, njogerere mu kulumwa kwʼemmeeme yange.

Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo, olijjukira bujjukizi ngʼamazzi agaayita edda. Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogwʼomu ttuntu, nʼekizikiza kijja kufuuka ngʼobudde obwʼoku nkya. Olibeera munywevu, kubanga olibeera nʼessuubi; olitunuulira ebikwetooloodde nʼowummulira mu mirembe. Oligalamira nga tewali nʼomu akutiisa, era bangi abalikunoonyaako omukisa.

Naye mmwe mumpayiriza; muli basawo abatagasa mmwe mwenna!

Ne bwʼanzita, mu ye mwe nnina essuubi, ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.

Bwʼatyo omuntu bwʼaggwaawo ngʼekintu ekivundu, ngʼolugoye oluliiriddwa ennyenje.”

Obulamu bwʼomubiri gwe bwokka bwʼawulira ne yeekungubagira yekka.”

Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba: nsigazzaawo bibuno byokka.

Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu, era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi. Era ngʼolususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;

“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo, ennaku ezʼokubonaabona zinzijjidde. Ekiro kifumita amagumba gange era obulumi bwe nnina tebukoma.

Olubuto lwange lutokota, terusirika; ennaku ezʼokubonaabona kwange zinjolekedde. Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana; nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi. Nfuuse muganda wʼebibe, munne wʼebiwuugulu. Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka; nʼomubiri gwange gwokerera.

Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye, nʼalumwa olutatadde mu magumba ge, obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere, emmeeme ye nʼekyayira ddala ebyassava. Omubiri gwe gugwako ku magumba, nʼamagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese, emmeeme ye nʼesembera kumpi nʼobunnya; obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.

Singa omuntu agamba Katonda nti, gunsinze, sikyaddayo kwonoona, kye sitegeera kinjigirize, bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola,

Awo Mukama nʼaggyawo ennaku ya Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye. Mukama nʼawa Yobu ebintu emirundi ebiri okusinga bye yalina okusooka. Awo baganda be bonna ne bannyina bonna ne bajja nʼabo abaali bamumanyi okusooka, ne balya naye emmere mu nnyumba ye; ne bamusaasira ne bamukulisa okubonaabona kwonna Mukama kwe yakkiriza okumutuukako. Buli omu ku bo nʼamuwaayo ffeeza nga bwe yasobola, nʼempeta ya zaabu.

Bakabaka abʼensi bakuŋŋaanye, nʼabafuzi ne bateeseza wamu ku Mukama ne ku Kristo we, nga bagamba nti, “Ka tukutule enjegere zaabwe, era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.” Naye Katonda oyo atuula mu ggulu, abasekerera busekerezi, nʼenkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.

Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma; ggwe kitiibwa kyange, era gwʼonzizaamu amaanyi. Nkoowoola Mukama nʼeddoboozi eryʼomwanguka, nʼannyanukula ngʼasinziira ku lusozi lwe olutukuvu. Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi, kubanga Mukama ye ampanirira. Siityenga enkumi nʼenkumi zʼabalabe bange abanneetoolodde, okunnumba.

Nnaagalamira ne nneebaka mirembe; kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama, ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu. Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi. Emmeeme yange ejjudde ennaku. Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe? Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange; omponye okufa olwʼokwagala kwo okungi.

Mukama kye kiddukiro kyʼabo abanyigirizibwa; era kye kigo kyabwe mu biseera ebyʼakabi. Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga; kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya, onzigye ku miryango gyʼokufa.

Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe nʼokubonaabona kwabwe obiraba era ojja kubikolako. Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo, kubanga gwe mubeezi wʼabatalina bakitaabwe.

Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi, nʼokunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi? Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza? Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange; onzizeemu amaanyi nneme okufa.

Nkulembeza Mukama buli kiseera, era ali ku mukono gwange ogwa ddyo, siinyeenyezebwenga. Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, nʼakamwa kange ne kajaguza; era nʼomubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe. Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe, wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda. Olindaga ekkubo eryʼobulamu; wʼoli we wanaabanga essanyu erijjuvu, era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.

Onkuume ngʼemmunye eyʼeriiso lyo; onkweke mu kisiikirize kyʼebiwaawaatiro byo. Omponye ababi abannumba, nʼabalabe bange abanneetoolodde.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo. Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange. Mukama lwe lwazi lwange, kyʼekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange, ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka; ye ngabo yange era ye mulokozi wange owʼamaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu. Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa, era amponya eri abalabe bange. Emiguwa gyʼokufa gyanneetooloola; embuyaga ezʼokusaanawo zansaanikira. Ebisiba ebyʼamagombe byanneetooloola; nʼemitego gyʼokufa ne ginjolekera. Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; ne nkaabirira Katonda wange annyambe. Yawulira eddoboozi lyange ngʼali mu yeekaalu ye; omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.

Kubanga tanyooma kwaziirana kwʼabo abali mu nnaku, era tabeekweka, wabula abaanukula bwe bamukoowoola.

Zabbuli ya Dawudi Mukama ye Musumba wange, seetaagenga. Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro lyʼomuddo omuto. Antwala awali amazzi amateefu. Akomyawo emmeeme yange. Annuŋŋamya okukola ebyʼobutuukirivu olwʼerinnya lye. Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu ekyʼekisiikirize ekyʼolumbe, siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo nʼomuggo gwo bye binsanyusa. Onsosootolera emmere abalabe bange nga balaba; onsiize amafuta ku mutwe, ekikompe kyange kiyiwa. Ddala ddala obulungi nʼokwagala okutaggwaawo binaagendanga nange ennaku zonna ezʼobulamu bwange; nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama, ennaku zonna.

Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa, kubanga nsigadde bwʼomu, era ndi munafu. Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange; mponya okweraliikirira kwange. Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange; onzigyeko ebibi byange byonna.

Zabbuli ya Dawudi Mukama gwe musana gwange nʼobulokozi bwange; ani gwe nnaatyanga? Mukama ge maanyi agʼobulamu bwange; ani asobola okuntiisa? Abalabe bange nʼabantu ababi bonna bwe banannumba nga baagala okunzita, baneesittala ne bagwa. Newaakubadde ngʼeggye linaasiisira okunneebungulula, omutima gwange teguutyenga; olutalo ne bwe lunansitukirangako, nnaabanga mugumu. Ekintu kimu kye nsaba Mukama, era ekyo kye nnoonya: okubeeranga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ezʼobulamu bwange, ne ndabanga obulungi bwa Mukama, era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye. Kubanga mu biseera ebyʼobuzibu anansuzanga mu nju ye; anankwekanga mu weema ye, nʼankuumira ku lwazi olugulumivu;

Kitange ne mmange bwe balindeka, Mukama anandabiriranga.

Mukama ge maanyi gange, era ye ngabo yange, ye gwe neesiga. Bwe ntyo ne nyambibwa. Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ezʼokumwebazanga.

Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe, nʼomponya. Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe, nʼomponya ekinnya. Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be; mutendereze erinnya lye ettukuvu. Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera, naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna. Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka essanyu ne lijja nga bukedde.

“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya ne nzikirira? Enfuufu eneekutenderezanga nʼetegeeza abantu obwesigwa bwo? Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire; Ayi Mukama, onnyambe.” Ofudde okwaziirana kwange amazina; onnyambuddemu ebibukutu, nʼonnyambaza essanyu; Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ezʼokukutenderezanga. Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.

Ontegere okutu kwo oyanguwe okunziruukirira. Beera ekiddukiro kyange ekyʼolwazi era ekigo ekyʼamaanyi ekyʼokumponya. Nga bwʼoli olwazi lwange era ekigo kyange; olwʼerinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.

Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi; amaaso gange gakooye olwʼennaku; omwoyo gwange nʼomubiri gwange nabyo binafuye olwʼobuyinike. Obulamu bwange buweddewo olwʼobunaku nʼemyaka gyange ne giggwaawo olwʼokusinda. Amaanyi gampweddemu olwʼokwonoona kwange, nʼamagumba ganafuye. Abalabe bange bonna bansekerera, banneetamiddwa. Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange, nʼabandaba mu kkubo banziruka. Nneerabiddwa ngʼeyafa edda; nfuuse ngʼekibumbe ekyatifu.

Entuuko zange ziri mu mikono gyo; ondokole mu mikono gyʼabalabe bange nʼabangigganya.

Bwe nasirikiranga ekibi kyange, ne nkogga, kubanga nasindanga olunaku lwonna. Wambonerezanga emisana nʼekiro, amaanyi ne ganzigwamu ngʼamazzi bwe gakalira mu kyeya.

Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya; abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo, abawonya okufa, era abawonya enjala.

Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama, nʼabawonya.

Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu, nʼamatu ge gawulira okukaaba kwabwe. Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi, okubasaanyizaawo ddala nʼobutaddayo kujjukirwa ku nsi. Abatuukirivu bakoowoola Mukama nʼabawulira nʼabawonya mu byonna ebiba bibateganya. Mukama abeera kumpi nʼabalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise. Omuntu omutuukirivu ayinza nʼokuba nʼebizibu bingi, naye byonna Mukama abimuyisaamu. Amagumba ge gonna Mukama agakuuma, ne watabaawo na limu limenyeka.

So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu, ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe, naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu, ne mbeera mu nnaku ngʼankungubagira owʼomukwano oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike ngʼakaabira nnyina.

Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika. Abʼebitiibwa nʼabatali ba bitiibwa baddukira mu biwaawaatiro byo. Balya ku bingi ebyʼomu nnyumba yo ne bakkuta; obawa ebyokunywa byʼomugga gwo ogwesiimisa. Kubanga gwʼolina ensulo eyʼobulamu, era gwʼotwakiza omusana.

Naye Mukama asekerera ababi, kubanga amanyi ngʼentuuko zaabwe ziri kumpi. Ababi basowoddeyo ebitala byabwe ne baleega emitego gyʼobusaale, batte abaavu nʼabali mu kwetaaga era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu. Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gye nnyini, nʼemitego gyabwe egyʼobusaale girimenyebwa.

Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu; obulamu bwe bunajjulanga emirembe.

Obusungu bwo bundwazizza nzenna, nʼamagumba gange gonna gansagala olwʼebyonoono byange. Omusango gwe nzizizza guyitiridde, gunzitoowerera ngʼomugugu omunene oguteetikkika. Ebiwundu byange bitanye era biwunya, olwʼokwonoona kwange okwʼobusirusiru. Nkootakoota era mpweddemu ensa, ŋŋenda nsinda obudde okuziba. Omugongo gunnuma nnyo, ne mu mubiri gwange temukyali bulamu. Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese; nsinda buli bbanga olwʼobulumi mu mutima. Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi, nʼokusinda kwange okuwulira. Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu; nʼokulaba sikyalaba.

Olekere awo okunkuba, emiggo gyʼonkubye giyitiridde! Onenya omuntu ngʼomukangavvula olwʼekibi kye kyʼakola, omumaliramu ddala ensa, ngʼennyenje bwʼekola olugoye. Ddala omuntu mukka bukka. Ayi Mukama, wulira okusaba kwange, owulire okukaaba kwange onnyambe. Tonsiriikirira nga nkukaabirira. Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze, nga bajjajjange bonna bwe baali.

Nʼanziggya mu kinnya ekyʼentiisa, nʼannyinyulula mu bitosi, nʼanteeka ku lwazi olugumu kwe nyimiridde. Anjigirizza oluyimba oluggya, oluyimba olwʼokutenderezanga Katonda waffe. Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama nʼokumwesiganga.

Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama, amazima nʼokwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.

Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde; nʼamuwonya mu bulumi. Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”

Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Essuubi lyo liteeke mu Katonda, kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange; ye mubeezi wange. Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise, yeeraliikiridde; naye nkujjukira olwʼebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni ne ku Lusozi Mizali.

Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda, eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika. Weewaawo nnaakutenderezanga nʼennanga, Ayi Katonda, Katonda wange. Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse munda yange? Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga, Omulokozi wange era Katonda wange.

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola. Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe; omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku. Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bwʼeneeyuuguumanga, ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bwʼennyanja;

Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda. Nnaagulumizibwanga mu mawanga. Nnaagulumizibwanga mu nsi. Katonda owʼEggye ali naffe; Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna; yʼanaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.

Bwʼobanga mu buzibu, nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.

Onzirize essanyu nʼokwesiima, amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.

Ssaddaaka Katonda gyʼayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo. Omutima ogumenyese era oguboneredde, Ayi Katonda, toogugayenga.

Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde. Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti, “Mumulabe omusajja ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye, naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi, ne yeeyongera nʼamaanyi ngʼazikiriza abalala.”

Amponyezza mu lutalo nga siriiko kintuseeko newaakubadde ngʼabannwanyisizza babadde bangi.

Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama, ajja kukuwanirira; kubanga talireka mutuukirivu kugwa.

Buli lwe ntya, neesiga ggwe. Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye, ye Katonda gwe neesiga; siityenga. Abantu obuntu bagenda kunkolako ki? Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula; ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi. Beekobaana ne bateesa, banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange; nga bannindirira banzite.

Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi; amaziga gange gateeke mu ccupa yo! Wagawandiika.

Katonda oyo gwe neesiga, siityenga. Abantu bayinza kunkolako ki? Ndituukiriza obweyamo bwange gyʼoli, Ayi Katonda; ndikuleetera ebirabo ebyʼokukwebaza. Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa. Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala; ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda mu musana nga ndi mulamu?

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, nʼalaga mu mpuku. Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire, kubanga neesiga ggwe. Nzija kwekweka mu kisiikirize kyʼebiwaawaatiro byo okutuusa okuzikirira bwe kulikoma:

Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera, era amawanga ago gonna oganyooma. Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu.

Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go; mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange. Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga ebyʼenkoba. Zabbuli ya Dawudi Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda; wulira okusaba kwange. Nkukoowoola okuva ku nkomerero yʼensi, omutima gwange nga gugenda gunafuwa. Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka. Kubanga gwʼoli kiddukiro kyange. Oli kigo ekyʼamaanyi mwe neekweka omulabe. Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna; ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.

Ya Mukulu wa Bayimbi, eri Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka; oyo obulokozi bwange mwe buva. Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange; ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga nʼakatono.

Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka; kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange. Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange, ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga. Okulokolebwa kwange nʼekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka; ye lwe lwazi lwange olwʼamaanyi era kye kiddukiro kyange. Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu, mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe, kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.

Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda. Ayi Katonda, oli Katonda wange, nkunoonya nʼomutima gwange gwonna; emmeeme yange ekwetaaga, omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira, nga nnina ennyonta ngʼali mu nsi enkalu omutali mazzi. Nkulabye ngʼoli mu kifo kyo ekitukuvu, ne ndaba amaanyi go nʼekitiibwa kyo. Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu; akamwa kange kanaakutenderezanga. Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna; nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo. Emmeeme yange enekkutanga ebyassava nʼobugagga; nnaayimbanga nga nkutendereza nʼemimwa egyʼessanyu. Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange, era nkufumiitirizaako mu ssaawa ezʼekiro. Olwʼokuba ngʼoli mubeezi wange, nnyimba nga ndi mu kisiikirize kyʼebiwaawaatiro byo. Emmeeme yange yeekwata ku ggwe; omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.

Ye Kitaawe wʼabataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu; ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu. Katonda afunira abatalina we babeera ekifo ekyʼokubeeramu, aggya abasibe mu kkomera nʼabagaggawaza; naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze nʼenvi, tonjabuliranga, Ayi Katonda, okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi, nʼokumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo. Nʼobutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu. Ggwʼokoze ebikulu, Ayi Katonda, ani akwenkana? Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo, ggwʼolinzizaamu obulamu, nʼompa amaanyi amaggya, nʼonnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi wʼensi. Olinnyongerako ekitiibwa nʼoddamu okunsanyusa. Nnaakutenderezanga ne nnanga eyʼenkoba olwʼobwesigwa bwo, Ayi Katonda wange; nnaakutenderezanga nʼentongooli, Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri. Nnaayimusanga eddoboozi lyange olwʼessanyu nga nkutendereza, nze gwʼonunudde!

Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo; gwʼonkwata ku mukono gwange ogwa ddyo. Mu kuteesa kwo onkulembera, era olintuusa mu kitiibwa. Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe? Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe. Omubiri gwange nʼomutima gwange biyinza okulemwa; naye Katonda ge maanyi gʼomutima gwange, era ye wange ennaku zonna.

Abanafu nʼabatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu nʼabanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.

Omwoyo gwange guyaayaana, gwagala na kuzirika, olwʼempya za Mukama, omutima gwange nʼomubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu. Weewaawo, ne nkazaluggya yeekoledde ekisu, nʼakataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo awo okumpi nʼEbyoto byo, Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange. Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo, banaakutenderezanga.

Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga; kubanga ononnyanukulanga.

Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi; wawonya omwoyo gwange amagombe.

Jjukira ekiseera kyʼobulamu bwange nga bwe kiri ekimpi. Wateganira bwereere okutonda abantu bonna! Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa nʼawangula amaanyi gʼemagombe?

Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe ekyʼokubeeramu emirembe gyonna.

Obwesige bwʼoyo atya Katonda. Oyo abeera mu kifo ekyʼekyama ekyʼoyo Ali Waggulu Ennyo; aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna. Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange; ggwe Katonda wange gwe nneesiga. Ddala ddala yʼanaakuwonyanga omutego gwʼomuyizzi, ne kawumpuli azikiriza. Alikubikka nʼebyoya bye, era mu biwaawaatiro bye mwʼonodukiranga; obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga. Tootyenga ntiisa ya kiro, wadde akasaale akalasibwa emisana; Newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza, wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu. Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo, nʼomutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo, naye olumbe terulikutuukako.

Kubanga bwʼolifuula Mukama ekiddukiro kyo; Ali Waggulu Ennyo nʼomufuula ekifo kyo mwʼobeera, tewali kabi kalikutuukako, so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo. Kubanga Mukama aliragira bamalayika be bakukuume mu makubo go gonna. Balikuwanirira mu mikono gyabwe; oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja. Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera; olirinnyirira empologoma eyʼamaanyi, nʼomusota. Olwʼokuba nga njagala kyendiva muwonya; nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange. Anankowoolanga ne muyitabanga; nnaabeeranga naye mu biseera ebyʼakabi. Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa. “Ndimuwangaaza nʼasanyuka era ndimulaga obulokozi bwange.”

Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi, okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.

Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange ekyʼamaanyi; ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.

Zabbuli eyʼokwebaza. Muleetere Mukama eddoboozi eryʼessanyu mmwe ensi zonna; Muweereze Mukama nʼessanyu; mujje mu maaso ge nʼennyimba ezʼessanyu. Mumanye nga Mukama ye Katonda; ye yatutonda, tuli babe, tuli bantu be era endiga ezʼomu ddundiro lye. Muyingire mu miryango gye nga mwebaza, ne mu mpya ze nʼokutendereza; mumwebaze mutendereze erinnya lye. Kubanga Mukama mulungi, nʼokwagala kwe kwa lubeerera; nʼobwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Okusaba kwʼoyo ali mu buyinike nga baagala kumutta, nʼafukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama. Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, okkirize okukoowoola kwange kutuuke gyʼoli. Tonneekweka mu biseera ebyʼobuyinike bwange. Ntegera okutu kwo onnyanukule mangu bwe nkukoowoola! Kubanga ennaku zange zifuumuuka ngʼomukka, nʼamagumba gange gaaka ngʼamanda. Omutima gwange gulinnyirirwa ngʼomuddo, era guwotose; neerabira nʼokulya emmere yange. Olwʼokwaziirana kwange okunene, nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.

Ennaku zange ziri ngʼekisiikirize kyʼolweggulo nga buziba; mpotoka ngʼomuddo. Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo eyʼobwakabaka emirembe nʼemirembe; erinnya lyo linajjukirwanga abʼomu mirembe gyonna.

Zabbuli Ya Dawudi Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, era teweerabiranga birungi bye byonna. Asonyiwa ebibi byo byonna, nʼawonya nʼendwadde zo zonna. Anunula obulamu bwo emagombe, nʼakusaasira era nʼakwagala nʼokwagala okutaggwaawo.

Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa era ngʼajjukira nti tuli nfuufu. Wabula omuntu, ennaku zʼobulamu bwe ziri ngʼomuddo; akula nʼagimuka ngʼekimuli ekyʼomu nnimiro; Empewo ekifuuwa, ne kifa; nga ne we kyali tewakyajjukirwa. Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo emirembe gyonna, nʼobulokozi bwe eri abaana bʼabaana baabwe.

Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi, naye obujeemu ne bubalemeramu, ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo. Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe, nʼabakwatirwa ekisa; Ku lwabwe, nʼajjukira endagaano ye; okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye. Nʼabaleetera okusaasirwa abo abaabawambanga.

Baalumwa ennyonta nʼenjala, obulamu bwabwe ne butandika okusereba. Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi; nʼabawonya mu kweraliikirira kwabwe.

Kubanga abalina ennyonta abanywesa, nʼabayala abakkusa ebirungi. Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize ekyʼokufa; abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi; Kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda, ne banyoomoola amagezi gʼoyo Ali Waggulu Ennyo. Baakozesebwa emirimu egyʼamaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike; baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo. Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe, era nʼabawonya; Nʼabaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize ekyʼokufa; nʼenjegere ezaali zibasibye nʼazikutula.

Abamu baafuuka basirusiru olwʼobujeemu bwabwe; ne babonaabona olwʼebikolwa byabwe ebibi. Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa. Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo, nʼabawonya. Yabatumira ekigambo kye, nʼawonya endwadde zaabwe; nʼabalokola mu kuzikirira.

Wummula ggwe emmeeme yange, kubanga Mukama abadde mulungi gyʼoli. Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa, nʼamaaso gange ogawonyezza okukaaba; nʼebigere byange nʼobiwonya okwesittala, ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama mu nsi eyʼabalamu.

Okufa kwʼabatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.

Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama, nʼannyanukula, nʼagimponya. Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kyentya. Abantu bayinza kunkolako ki?

Kirungi okwesiga Mukama okusinga okwesiga omuntu. Kirungi okuddukira eri Mukama okusinga okwesiga abalangira.

Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu, ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama byʼakoze.

Mukama ambonerezza nnyo, naye tandese kufa.

Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu; nkusaba onzizeemu endasi ngʼekigambo kyo bwe kiri.

Emmeeme empweddemu ensa olwʼokunakuwala; onzizeemu amaanyi ngʼekigambo kyo bwe kiri.

Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.

Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo, naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.

Okubonerezebwa kwangasa, ndyoke njige amateeka go.

Mmanyi, Ayi Mukama, ngʼamateeka go matukuvu, era wali mutuufu okumbonereza. Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse, nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo. Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu; kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.

Singa nnali sisanyukira mu mateeka go, nandizikiridde olwʼobulumi bwe nalimu. Siyinza kwerabira biragiro byo; kubanga mu ebyo obulamu bwange mwʼobufuulidde obuggya.

Nnumizibwa nnyo; nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ngʼekigambo kyo bwe kiri.

Newaakubadde nga ndi mu kulumwa nʼokutegana okungi, amateeka go ge gansanyusa.

Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu nʼensi.

Mukama anaakukuumanga mu buli kabi; anaalabiriranga obulamu bwo. Mukama anaakukumanga amagenda go nʼamadda, okuva leero nʼokutuusa emirembe gyonna.

Abo abasiga nga bakaaba amaziga, baliyimba ennyimba ezʼessanyu nga bakungula. Oyo agenda ngʼakaaba ngʼatwala ensigo okusiga; alikomawo ngʼayimba ennyimba ezʼessanyu ngʼaleeta ebinywa bye.

Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira era essuubi lyange liri mu kigambo kye. Emmeeme yange erindirira Mukama; mmulindirira okusinga ngʼabakuumi bwe balindirira obudde okukya; okusingira ddala ngʼabakuumi bwe balindirira obudde okukya.

Ya mukulu wʼokuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama, omponye abantu abakambwe; abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi; abanoonya entalo buli kiseera. Ebigambo byabwe byogi ngʼennimi zʼemisota; ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ngʼobwʼessalambwa.

Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, yʼayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.

Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku. Nkaabirira Mukama nʼeddoboozi eryʼomwanguka; neegayirira Mukama ansaasire. Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa, ne mmwanjulira ebinteganya byonna. Omwoyo gwange bwe gunnennyika, gwʼomanyi ekyʼokunkolera. Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita. Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera; sirina wa kwekweka, era tewali nʼomu anfaako. Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama, nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange, ggwe mugabo gwange mu nsi muno.” Owulire okukaaba kwange, kubanga njeezebwa nnyo! Mponya abanjigganya, kubanga bansinza nnyo amaanyi. Nziggya mu kkomera, ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo. Abatuukirivu balinneetooloola, ngʼonkoledde ebyekisa ekingi ebingi.

Ngolola emikono gyange gyʼoli, ne nkuyaayaanira ngʼettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba. Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama, kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi. Tonkisa maaso go, nneme okufaanana ngʼabafu.

Mukama abeera kumpi nʼabo bonna abamukoowoola; abo bonna abamukoowoola mu mazima. Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala, era awulira okukaaba kwabwe nʼabawonya. Mukama akuuma bonna abamwagala, naye abakola ebibi alibazikiriza. Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama, era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu emirembe nʼemirembe.

Atereeza ensonga zʼabajoogebwa mu bwenkanya, nʼabalumwa enjala abawa ebyokulya. Mukama asumulula abasibe. Mukama azibula amaaso ga bamuzibe, era awanirira abazitoowereddwa. Mukama ayagala abatuukirivu. Mukama alabirira bannamawanga, era ayamba bamulekwa ne bannamwandu; naye ekkubo lyʼabakola ebibi alifaafaaganya.

Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese, era ajjanjaba ebiwundu byabwe.

Weesige Mukama nʼomutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka. Mukama mukulembezenga mu byʼokola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga nʼowangula. Amagezi go tegakusigulanga, naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi. Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo nʼamagumba go ne gadda buggya.

Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika, naye ekigambo ekyʼekisa kimusanyusa.

Omutima omusanyufu guleeta essanyu ku maaso, naye omutima omunyiikaavu gunafuya emmeeme.

Omutima ogwʼessanyu ddagala ddungi, naye omwoyo omunyiikaavu gukozza omubiri.

Erinnya lya Mukama kigo kyʼamaanyi, omutuukirivu addukira omwo nʼafuna emirembe.

Omwoyo gwʼomuntu gumuwanirira mu bulwadde, naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?

Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta, era nʼabo abalwagala balirya ebibala byalwo.

Bwʼoyongobera mu kiseera ekyʼebizibu, olwo ngʼolina amaanyi matono! Odduukiriranga nʼowonya abo abatwalibwa okuttibwa, nʼabo abali ku njegoyego zʼokuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.

Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa, nʼomwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike. Mumuleke anywenga yeerabire obwavu bwe, alemenga kujjukira nate buyinike bwe. Yogereranga abo abatasobola kweyogerera, otunulenga mu nsonga zʼabo bonna abaasigala ettayo.

Buli kintu kirina ekiseera kyakyo, na buli ekikolebwa wansi wʼeggulu kirina ekiseera kyakyo. Waliwo ekiseera ekyʼokuzaalibwa nʼekiseera ekyʼokufa; ekiseera ekyʼokusimba ate nʼekiseera ekyʼokukungula ebyo ebyasimbibwa; ekiseera ekyʼokutta nʼekiseera ekyʼokuwonya; ekiseera ekyʼokumenya nʼekiseera ekyʼokuzimba; ekiseera ekyʼokukaabiramu nʼekiseera ekyʼokusekeramu; ekiseera ekyʼokukungubaga nʼekiseera ekyʼokuzina;

Obwatiikirivu bwʼerinnya eddungi businga ebyʼakawoowo ebirungi; nʼolunaku olwʼokufa lusinga olwo olwʼokuzaalirwako. Kirungi okulaga mu nnyumba eyʼabakungubaga okusinga okulaga mu nnyumba eyʼebyassava. Kubanga buli omu wa kufa, ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu. Okunakuwala kusinga okuseka, kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi. Omutima gwʼomugezi guba wamu nʼabo abali mu nnaku; naye ogwʼomusirusiru guba mu kusanyuka.

Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka; naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko; Katonda eyakola ekimu era ye yakola ne kinnaakyo. Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako mu nnaku ze ezʼomu maaso.

Lwaki mweyongera okujeema? Mwagala mwongere okubonerezebwa? Omutwe gwonna mulwadde, nʼomutima gwonna gunafuye. Okuva mu mala gʼekigere okutuuka ku mutwe temuli bulamu wabula ebiwundu, nʼokuzimba, nʼamabwa agatiiriika amasira agatanyigibwanga, okusibibwa, wadde okuteekebwako eddagala.

Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe, era batandise okuyimba.

Era Mukama alibonereza Misiri, ngʼakuba, ate ngʼawonya. Nabo balidda gyʼali, balimwegayirira era alibawonya.

Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa, nʼobulumi bunkwata, ngʼomukazi alumwa okuzaala; nnyiize olwʼebyo bye mpulira, bye ndaba bimazeemu amaanyi.

Ensi ekala nʼeggwaamu obulamu, ensi ekala nʼewuubaala, abantu abʼekitiibwa baggwaamu amaanyi. Ensi eyonooneddwa abantu baayo, bajeemedde amateeka, bamenye ebiragiro, ne bamenyawo nʼendagaano eyʼemirembe nʼemirembe. Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi; nʼabantu baayo bateekwa okusasula olwʼomusango ogwabasinga. Abatuuze bʼensi bayidde, Era abatono be basigaddewo.

Ddala obadde kiddukiro eri abaavu, ekiddukiro eri oyo eyeetaaga, ekiddukiro ngʼeriyo embuyaga nʼekisiikirize awali ebbugumu. Omukka gwʼabʼentiisa guli ngʼembuyaga ekuntira ku kisenge

era alimalirawo ddala okufa. Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna, era aliggyawo okuswazibwa kwʼabantu be mu nsi yonna. Mukama ayogedde.

Mukama alikuuma mirembe oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe. Weesigenga Mukama ennaku zonna, kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.

Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe, nʼebyo byonna bye tukoze, ggwʼobitukoledde.

Songa Mukama ayagala nnyo okuba owʼekisa gyʼoli; era agolokoka okukulaga okusaasira. Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya, balina omukisa bonna abamulindirira. Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bwʼolimukaabira ngʼomusaba akuyambe. Amangwago ngʼawulidde, alikwanukula. Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogwʼokulaba ennaku, nʼamazzi agʼokubonaabona, abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba nʼamaaso go. Bwʼolidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino lyʼekkubo, litambuliremu.”

Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, nʼamaviivi agajugumira mugagumye. Mugambe abo abalina omutima omuti nti, Mubeere nʼamaanyi temutya: laba Katonda wammwe alijja; alibalwanirira, alage abalabe bammwe obusungu obwʼObwakatonda, era alibalokola. Olwo amaaso gʼabazibe galiraba, era nʼamatu gʼabakiggala galigguka; Omulema alibuuka ngʼennangaazi, nʼolulimi lwʼabatayogera luliyimba nʼessanyu. Amazzi galifubutuka ne gakulukutira mu lukoola nʼemigga mu ddungu.

Era eribaayo oluguudo olunene, nʼekkubo, eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu. Abatali balongoofu tebaliriyitamu, liriba lyʼabali abalongoofu, kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu. Teribaayo mpologoma, so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe; tezirirabikayo, naye abanunule balitambulira eyo. Nʼabantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba, nʼessanyu eritaggwaawo nga libajjudde. Balifuna essanyu lingi nnyo nʼokujaguza, okunakuwala nʼokusinda nga biggweereddewo ddala.

Mugumye, mugumye abantu bange, bwʼayogera Katonda wammwe. Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti, entalo ze ziweddewo, nʼobutali butuukirivu bwe busasuliddwa. Era Mukama amusasudde emirundi ebiri olwʼebibi bye byonna.

Aliisa ekisibo kye ngʼomusumba, akuŋŋaanya abaana bʼendiga mu mukono gwe nʼabasitula mu kifuba kye, nʼakulembera mpola mpola ezibayonsa.

Tonnamanya? Tonnawulira? Mukama, ye Katonda ataliggwaawo. Omutonzi wʼenkomerero yʼensi. Tazirika so takoowa era nʼamagezi ge tewali nʼomu ayinza kugapima. Awa amaanyi abazirika, nʼoyo atalina buyinza amwongerako amaanyi. Abavubuka bazirika, bakoowa, nʼabalenzi bagwira ddala. Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira nʼebiwaawaatiro ngʼempungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.

Totya kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi. Wewaawo nnaakuyambanga nʼomukono ogwa ddyo ogwʼobutuukirivu bwange.”

“Abaavu nʼabali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi ne baganoonya naye ne gababula, ate nga ennimi zaabwe zikaze, nze Mukama ndibawulira, nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.

Naye kaakano bwʼatyo bwʼayogera Mukama oyo eyakutonda, ggwe Yakobo, eyakukola ggwe Isirayiri: “Totya kubanga nkununudde, nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange. Bwʼonooyitanga mu mazzi amawanvu nnaabeeranga naawe, ne bwʼonooyitanga mu migga tegirikusaanyaawo; bwʼonooyitanga mu muliro tegukwokyenga, ennimi zʼomuliro tezirikwokya.

Nze nteekawo ekitangaala nʼentonda ekizikiza. Nze ndeeta okukulaakulana nʼokubonaabona. Nze Mukama akola ebyo byonna.”

Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo. Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga. Nze nabakola era nze nnaabawekanga. Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.

Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza. Nkugezesezza mu kirombe kyʼokubonaabona.

Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta, ebbugumu lyʼomu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya. Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera, anaabatwalanga awali enzizi zʼamazzi.

Yogerera waggulu nʼessanyu, era jjaguza ggwe ensi. Muyimbe mmwe ensozi! Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.

Laba, nkuwandiise mu bibatu byʼengalo zange; ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.

Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni; akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni, nʼeddungu libeere ngʼennimiro ya Mukama; Essanyu nʼokujaguza biryoke bibeere omwo, okwebaza nʼamaloboozi agʼokuyimba.”

Nʼabo Mukama be wawonya balikomawo ne bajja mu Sayuuni nga bayimba. Essanyu eryʼemirembe nʼemirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe. Balisanyuka ne bajaguza; ennaku nʼokusinda bibadduke. “Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi. Mmwe baani abatya omuntu alifa, nʼomwana wʼomuntu ali ngʼomuddo,

Ani akkiriza ebigambo byaffe, era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama? Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ngʼekisimbe ekigonvu era ngʼomulandira oguva mu ttaka ekkalu. Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gyʼali; tewaali kalungi mu ye katumwegombesa. Yanyoomebwa nʼagaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku nʼobuyinike. Tetwayagala na kumutunulako, ngʼomuntu gwe wandikubye amabega ngʼayitawo, bwe twamunyooma ne tutamuyitamu kabuntu. Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, nʼatwala ennaku yaffe, obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga. Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe kyali kibonerezo okuva eri Katonda. Naye yafumitibwa olwʼokusobya kwaffe. Yabetentebwa olwʼobutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera nʼemirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya. Ffenna twawaba ngʼendiga; buli omu ku ffe nʼakwata ekkubo lye; Mukama nʼamuteekako obutali butuukirivu bwaffe ffenna. Yanyigirizibwa era nʼobonyaabonyezebwa naye talina kye yanyega, yali ngʼomwana gwʼendiga ogutwalibwa okuttibwa, era ngʼendiga bwesirika obusirisi mu maaso gʼabo abagisalako ebyoya bwesirika, bwʼatyo bwe yasirika. Mu kunyigirizibwa nʼokusalirwa omusango yatwalibwa. Ani amanyi ku bye zadde lye? Yaggyibwa mu nsi yʼabalamu, ngʼakubiddwa olwʼokusobya kwʼabantu, bange. Ne bamussa mu ntaana nʼabakozi bʼebibi, nʼaziikibwa nʼabagagga mu kufa kwe, newaakubadde nga teyazza musango wadde akamwa ke okwogera ebyʼobulimba. Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta, era nʼokumuleetera okubonaabona. Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olwʼekibi, aliraba ezzadde, era obulamu bwe bulyongerwako, nʼebyo Mukama byʼasiima biriraba omukisa mu mukono gwe. Oluvannyuma lwʼokubonaabona kwʼobulamu bwe, bwʼaliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera. Era olwʼebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu; era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe. Kyendiva mmuwa ekifo ekyʼekitiibwa mu bangi, era aligabira bangi omunyago kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa, nʼabalirwa wamu nʼabakozi bʼebibi. Era yeetikka ebibi byʼabangi era ne yeegayiririra abakozi bʼebibi.

“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi. Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa. Olyerabira ensonyi zʼobuvubuka bwo, nʼekivume kyʼobwannamwandu bwo tolikijjukira nate.

Olinywezebwa mu butuukirivu era toojoogebwenga, kubanga tolitya, onoobanga wala nʼentiisa kubanga terikusemberera.

Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola, era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe. Guno gwe mugabo gwʼabaddu ba Mukama, nʼobutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,” bwʼayogera Mukama.

Kubanga mulifuluma nʼessanyu ne mugenda mirembe, ensozi nʼobusozi nabyo ne bitandika okuyimba nga bibalabye, nʼemiti gyonna ne gitendereza nʼessanyu.

Ayingira mu mirembe nʼafuna okuwummulira mu kufa kwe, ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.

Kubanga bwʼatyo bwʼayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe nʼemirembe, owʼerinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu nʼoyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gwʼabakkakkamu, era nʼogwʼabo ababoneredde.

Nalaba byʼakola, naye ndimuwonya. Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga. Mirembe, era mirembe, eri abo abali ewala nʼeri abo abali okumpi, era ndibawonya,” bwʼayogera Mukama.

Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana? Olunaku omuntu lwʼeyetoowalizaako? Kukutamya bukutamya mutwe, kuguweta nga lumuli nʼokugalamira mu bibukutu mu vvu? Okwo kwe muyita okusiiba, olunaku olusiimibwa Mukama? Kuno kwe kusiiba kwe nalonda; okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu, nʼokuggyawo emiguwa gyʼekikoligo, nʼokuta abo abanyigirizibwa, nʼokumenya buli kikoligo? Si kugabira bayala ku mmere yo, nʼokusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo; bwʼolaba ali obwereere, nʼomwambaza nʼotekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?

Awo omusana gwo gulyoke guveeyo gwake ngʼemmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu; obutuukirivu bwo bukukulembere, era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega. Olwo olikoowoola, Mukama nʼakuddamu; olikaaba naye nʼakuddamu nti, Ndi wano. “Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza nʼokusonga ennwe, nʼokwogera nʼejjoogo; bwʼolyewaayo okuyamba abayala nʼodduukirira abali mu buzibu, olwo omusana gwo gulyaka nʼova mu kizikiza, ekibadde ekiro kifuuke ettuntu. Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, nʼakuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga, amagumba go aligongeramu amaanyi; era olibeera ngʼennimiro enfukirire obulungi, era ngʼoluzzi olwʼamazzi agatakalira.

Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu nʼabali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, nʼabasibe bateebwe bave mu makomera. Okulangirira omwaka gwa Mukama ogwʼokulabiramu obulungi bwe; olunaku lwa Mukama olwʼokuwalanirako eggwanga era nʼokuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga. Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga, okubawa engule eyʼobubalagavu mu kifo kyʼevvu, nʼamafuta agʼessanyu mu kifo kyʼennaku. Ekyambalo kyʼokutendereza mu kifo kyʼomwoyo wʼokukeŋŋeentererwa balyoke bayitibwe mivule gyʼabutuukirivu, ebisimbe bya Mukama, balyoke baweebwe ekitiibwa.

Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna, era malayika ayimirira mu maaso ge nʼabawonya. Mu kwagala kwe nʼekisa kye yabanunula; yabayimusa nʼabeetikka mu nnaku zonna ezʼedda.

“Laba nditonda eggulu eriggya nʼensi empya. Ebintu ebyʼedda tebijja kujjukirwa wadde okulowoozebwako mu mutima. Naye musanyukire ekyo kye ntonda mujaguze emirembe nʼemirembe, kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu nʼabantu baamu okuba okujaguza. Ndijaguza olwa Yerusaalemi era nsanyukire abantu bange; amaloboozi agʼokukaaba tegaliddayo kuwulirwamu.”

Ngʼomwana bwʼasanyusibwa nnyina, bwe ntyo bwe ndikuzzaamu amaanyi mu Yerusaalemi.”

Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, nga Mukama lyʼessuubi lye. Ali ngʼomuti ogusimbiddwa awali amazzi, ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali gʼomugga, nga wadde omusana gujja, tegutya nʼamakoola gaagwo tegawotoka, so tegulyeraliikirira mu mwaka ogwʼekyeya era teguliremwa kubala bibala.

Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona, ndokola nange nnaalokoka, kubanga ggwe gwe ntendereza.

Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ezʼokubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ezʼokubawa essuubi era nʼobulamu obwʼomu maaso,” bwʼayogera Mukama. “Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira,” bwʼayogera Mukama. “Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya nʼomutima gwammwe gwonna.

Naye ndikuzzaawo owone, ndiwonya ebiwundu byo,” bwʼayogera Mukama, “kubanga oyitibwa eyasuulibwa, Sayuuni atalina nʼomu amufaako.”

Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika.” Awo we nazuukukira ne ntunulatunula. Otulo twange twali tunnyumidde.

“ ‘Naye ndikiwa obulamu nʼokuwonyezebwa; ndiwonya abantu bange, mbaleetere okweyagalira mu mirembe emigazi era eminywevu.

Nzijukira okubonaabona kwange nʼokuwankawanka kwange, nʼobulumi nʼobubalagaze. Mbijjukira bulungi era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.

Olwʼokwagala kwa Mukama okutaggwaawo, tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; nʼobwesigwa bwo bwa lubeerera. Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange, kyenaava mbeera nʼessuubi mu ye.” Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi, eri oyo amunoonya. Kirungi omuntu okulindirira obulokozi bwa Mukama nʼobukkakkamu.

Newaakubadde ngʼaleeta obulumi, aliraga ekisa kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo. Tagenderera kuleeta bulumi newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.

Bwe nakukoowoola wansemberera nʼoyogera nti, “Totya!” Mukama watunula mu nsonga yange, era nʼonunula obulamu bwange.

Olususu lwaffe luddugadde ngʼenziro olwʼenjala ennyingi.

Ndizirabiririra mu ddundiro eddungi ne ku ntikko zʼensozi za Isirayiri we zirirundirwa. Eyo gye zirigalamira mu ddundiro eddungi era gye ziririira omuddo omugimu ku nsozi za Isirayiri. Nze kennyini ndirabirira endiga zange, ne nzigalamiza wansi mirembe, bwʼayogera Mukama Katonda. Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba. Ndigyanjaba ezaalumizibwa, ne ŋŋumya ennafu, naye ensava era ezʼamaanyi ndizizikiriza. Ndirunda ekisibo mu bwenkanya.

Nebukadduneeza nʼayogera nti, “Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we nʼalokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo.

Katonda wange yatumye malayika we, nʼaziba emimwa gyʼempologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.” Kabaka nʼasanyuka nnyo nʼalagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri nʼaggyibwa mu mpuku, nʼatasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we.

Alokola era awonya: akola obubonero nʼebyamagero mu ggulu ne ku nsi. Yalokodde Danyeri mu mannyo gʼempologoma.”

“Mujje, tudde eri Mukama. Atutaaguddetaagudde, naye alituwonya; atuleeseeko ebiwundu, naye ebiwundu alibinyiga. Oluvannyuma olwʼennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku olwokusatu alituzza buggya, ne tubeera balamu mu maaso ge.

Ndibanunulayo mu maanyi gʼemagombe, era ndibalokola mu kufa. Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa? Ggwe magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? Sirimusaasira,

“Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo. Lyali ggye lyange eryʼamaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera, nʼenzige ezisala obusazi, awamu nʼezo ezizikiririza ddala. Kale, munaabanga nʼebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga. Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo. Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.

nti, “Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama nʼanziramu; mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola, era nʼowulira eddoboozi lyange!

Mukama Katonda ali naawe, owʼamaanyi alokola: alikusanyukira, alikukkakkanyiza mu kwagala kwe, alikusanyukira nʼokuyimba.”

Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba eyʼobutuukirivu eribaviirayo ngʼerina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ngʼennyana ezʼomu kiraalo.

Kerode bwe yalaba ngʼAbagezigezi banyoomye ekiragiro kye, nʼasunguwala nnyo, nʼatuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi abʼemyaka ebiri nʼabatannagiweza, ngʼasinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye. Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira ngʼagamba nti, “Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, okukuba emiranga nʼokukungubaga okunene, nga Laakeeri akaabira abaana be, nga tewakyali asobola kumuwooyawooya, kubanga bonna baweddewo.”

Yesu nʼabuna wonna mu Ggaliraaya ngʼayigiriza mu makuŋŋaaniro gʼAbayudaaya ngʼabuulira Enjiri eyʼobwakabaka obwʼomu ggulu, era ngʼawonya buli ndwadde yonna nʼobuyongobevu bwonna mu bantu. Amawulire agʼebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, nʼabalina ebibabonyaabonya, nʼabʼensimbu nʼabo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye nʼabʼendwadde endala ezitali zimu, bonna nʼabawonya.

“Balina omukisa abaavu mu mwoyo, kubanga abo Obwakabaka obwʼomu ggulu bwe bwabwe. Balina omukisa abali mu nnaku, kubanga abo balisanyusibwa.

Balina omukisa abayigganyizibwa olwʼobutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obwʼomu ggulu bwe bwabwe.” “Mulina omukisa mmwe, bwe banaabavumanga, ne babayigganya, ne baboogerako ebibi ebya buli ngeri, ne babawaayiriza, nga babalanga nze. Musanyuke era mujaguze kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, ne bannabbi abʼedda bwe baayigganyizibwa bwe batyo.”

Naye nze mbagamba nti, Mwagalenga abalabe bammwe! Musabirenga ababayigganya!

“Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, nʼomubiri gusinga ebyambalo. Mulabire ku nnyonyi ezʼomu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu mawanika, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo? Ani ku mmwe, bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe eddakiika nʼemu?” “Naye lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mulabire ku malanga agʼoku ttale! Tegaliiko kye geekolera, naye ne Kabaka Sulemaani mu kitiibwa kye teyayambalako ngʼerimu ku go. Naye obanga Katonda ayambaza obulungi bwʼatyo omuddo ogwʼomu nsiko ogwʼekiseera obuseera, oguliwo kaakano ate enkya nga gwokeddwa, mmwe talibambaza nnyo nʼokusinga omuddo ogwo? Nga mulina okukkiriza okutono! Noolwekyo temweraliikiririranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki? Oba nti, Tunaanywa ki? Oba nti, Tunaayambala ki?’ Ebyo byonna Bannamawanga bye bayaayaanira. Naye Kitammwe ali mu ggulu amanyi ngʼebyo byonna mubyetaaga. Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda nʼobutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako. Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olwʼenkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala.”

“Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo. Kubanga buli asaba aweebwa, na buli anoonya azuula, na buli akonkona aggulirwawo.”

Omusajja omugenge nʼajja gyʼali nʼamuvuunamira ngʼagamba nti, “Mukama wange, bwʼobanga oyagala oyinza okunnongoosa.” Yesu nʼagolola omukono gwe nʼamukwatako nʼamugamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago omusajja nʼawona ebigenge.

Awo Yesu bwe yayingira mu Kaperunawumu, omuserikale Omuruumi, omukulu wʼekitongole kyʼabaserikale ekikumi, nʼajja nʼamwegayirira, ngʼagamba nti, “Mukama omulenzi wange mulwadde nnyo, amaze ebbanga ddene ngʼakoozimbye ali ku kitanda era abonaabona nnyo.” Yesu nʼamuddamu nti, “Nnajja ne mmuwonya.” Omukulu wʼekitongole nʼagamba Yesu nti, “Mukama, sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange, yogera bwogezi ekigambo, omulenzi wange anaawona! Kubanga nange waliwo abakulu abantwala, ate nga nange nnina be nfuga. Bwe ndagira omu nti, ‘Genda,’ agenda, nʼomulala nti, ‘Jjangu,’ era ajja, nʼomuddu wange nti, ‘Kola kino,’ era akikola.” Yesu bwe yawulira ekyo ne yeewunya nnyo, nʼagamba abaali bamugoberera nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Sinnalabayo muntu alina kukkiriza nga kuno wadde mu lsirayiri! Mbagamba nti bangi baliva mu buvanjuba ne mu bugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo mu bwakabaka obwʼomu ggulu. Naye abaana bʼobwakabaka, baligoberwa ebweru mu kizikiza ekikutte, eriba okukaaba nʼokuluma obujiji.” Awo Yesu nʼagamba omukulu wʼekitongole Omuruumi nti, “Ggenda. Nga bwʼokkirizza kikukolerwe.” Omulenzi we nʼawonerawo mu kiseera ekyo.

Awo Yesu bwe yayingira mu maka ga Peetero yasanga nnyina wa muka Peetero alwadde omusujja mungi, ngʼagalamidde ku kitanda. Yesu nʼamukwata ku mukono omusujja ne gumuwonako, nʼagolokoka nʼamuweereza.

Obudde bwe bwawungeera, ne bamuleetera abalwadde bangi abaaliko baddayimooni. Nʼayogera bwogezi kigambo baddayimooni nʼabagoba, era nʼawonya nʼabalala bonna abaali balwadde. Bwe kityo ekigambo ekyayogerebwa mu nnabbi Isaaya ne kituukirira bwe yagamba nti: “Yatuwonya endwadde zaffe, era nʼatwala obunafu bwaffe.”

Awo omuyaga mungi ogwʼamaanyi ne gujja ku nnyanja, amayengo amagulumivu ne gaba kumpi okubuutikira eryato. Naye yali yeebase. Abayigirizwa be ne bajja gyʼali ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Mukama waffe, tulokole, tusaanawo!” Yesu nʼabaddamu nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?” Nʼagolokoka nʼaboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja nʼeteeka.

Awo bwe yatuuka emitala wʼeri mu nsi yʼAbagadaleni, abasajja babiri abaaliko baddayimooni ne bava mu malaalo ne bajja gyʼali. Baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo. Ne bawowoggana nnyo nti, “Otwagaza ki, ggwe Omwana wa Katonda! Ojjidde ki okutubonyaabonya ngʼekiseera kyaffe tekinnaba kutuuka?” Walako ne we baali waaliwo eggana lyʼembizzi nga zirya, baddayimooni ne basaba Yesu nti, “Obanga ogenda kutogoba ku bantu bano, tusindike mu ggana lyʼembizzi.” Yesu nʼagamba baddayimooni nti, “Kale, mugende.” Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo.

Amangwago ne bamuleetera omuntu eyali akoozimbye nga bamusitulidde ku katanda. Bwe yalaba okukkiriza kwabwe nʼagamba omulwadde nti, “Mwana wange, guma omwoyo, nkusonyiye ebibi byo!” Naye waaliwo abamu ku bannyonnyozi bʼamateeka ne boogeraganya bokka na bokka nti, “Omuntu ono avvoola! Alowooza nti Ye Katonda!” Yesu nʼamanya bye balowooza. Nʼabagamba nti, “Lwaki mubeera nʼebirowoozo ebibi mu mitima gyammwe? Ekyo buli muntu ayinza okukyogera, kubanga kwogera bwogezi. Naye mutegeere nga Omwana wʼOmuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo nʼagamba akoozimbye nti, “Yimirira weetikke akatanda ko, weddireyo ewammwe!” Nʼayimirira ngʼawonye, ne yeddirayo eka.

Yesu bwe yawulira nʼabaddamu nti, “Abalamu tebeetaaga musawo wabula abalwadde.

Omukazi eyali alwadde ekikulukuto kyʼomusaayi, okumala emyaka kkumi nʼebiri, nʼajja emabega we nʼakoma ku kyambalo kye. Kubanga yʼagamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.” Yesu nʼakyuka nʼalaba omukazi nʼamugamba nti, “Muwala, guma omwoyo! Owonye olwʼokukkiriza kwo.” Omukazi nʼawonera mu kiseera ekyo.

Awo Yesu bwe yatuuka mu maka gʼomufuzi nʼasanga abafuuyi bʼamakondeere nʼekibiina nga kijagaladde, nʼagamba nti, “Mufulume kubanga omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi.” Bonna ne bamusekerera nga bwe beesooza. Naye abantu bwe bamala okufuluma, Yesu nʼayingira, nʼakwata omukono gwʼomuwala, nʼagolokosa omuwala.

Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe bʼamaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!” Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja wʼali. Yesu nʼababuuza nti, “Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo, Mukama waffe.” Awo nʼakoma ku maaso gaabwe nʼabagamba nti, “Kale, olwʼokukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa.” Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu nʼabakuutira nnyo baleme kubuulirako muntu yenna.

Awo Yesu ne be yali nabo, bwe baali bafuluma ne bamuleetera kiggala eyali tayogera kubanga yaliko dayimooni. Yesu nʼamugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala nʼayogera. Abantu bonna ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, “Kino tekibangawo mu Isirayiri.”

Yesu nʼagenda ngʼayita mu bibuga byonna ebyʼomu kitundu ekyo, ne mu byalo ngʼayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ngʼabuulira Enjiri eyʼobwakabaka. Era buli we yatuukanga nʼawonya abalwadde nʼabakoozimbye bonna.

Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri, ne bajja gyʼali nʼabawa obuyinza okugobanga baddayimooni, nʼokuwonyanga buli ndwadde nʼokukozimba ebya buli ngeri.

Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.

Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo nʼomubiri mu ggeyeena. Enkazaluggya ebbiri tezituundibwa sente emu? Naye tewali nʼemu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi. Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.

Omuntu ayagala ennyo obulamu bwe alibufiirwa, naye alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola.

Abazibe bʼamaaso balaba, nʼabalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, nʼabafu bazuukizibwa nʼabaavu babuulirwa Enjiri.

“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, nʼemyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo. Kubanga ekikoligo kyange kyangu, nʼomugugu gwange teguzitowa.”

Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti. Baali basuubira nti Anaddamu nti Kituufu, balyoke bamuwawaabire. Naye nʼabaddamu nti, “Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ngʼalina endiga emu, nʼegwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu? Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti.” Bwʼatyo nʼagamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Nʼagugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo!

Naye Yesu bwe yakimanya nʼafuluma mu kuŋŋaaniro, abantu bangi nnyo ne bamugoberera, nʼawonya abaali abalwadde bonna,

Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe wʼamaaso era nga tayogera. Nʼamuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera nʼasobola okwogera nʼokulaba.

Ensigo eyagwa ku lwaziyazi efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo amangwago nʼakyaniriza nʼessanyu, naye olwʼokuba nga talina mmizi mu ye, wa kaseera buseera, ennaku nʼokuyigganyizibwa bwe bijja olwʼekigambo, amangwago nʼagwa.

Yesu bwe yava eyo nʼalaba, abantu bangi nʼabasaasira nʼawonya abalwadde baabwe.

Abantu bʼomu kitundu ekyo bwe baamutegeera ne batumya abalwadde bonna ne babamuleetera. Ne bamwegayirira waakiri bakomeko bukomi ku lukugiro lwʼekyambalo kye, era buli eyakomako nʼawonyezebwa.

Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, nʼajja eri Yesu nʼamwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.” Naye Yesu nʼasirika nʼatamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bwʼomugoba nʼagenda. Ngʼayitirizza okutukaabirira.” Naye Yesu nʼaddamu omukazi nti, “Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula.” Naye omukazi nʼasembera awali Yesu nʼamusinza, nʼamwegayirira ngʼagamba nti, “Mukama wange, nnyamba.” Yesu nʼamuddamu nti, “Si kituufu okuddira emmere yʼabaana okugisuulira embwa.” Omukazi nʼaddamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye nʼembwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.” Awo Yesu nʼamugamba nti, “Mukazi watu, ngʼokukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bwʼoyagala.” Amangwago muwala we nʼawonera mu kiseera ekyo.

Abantu bangi ne bajja gyʼali, ne bamuleetera, abakoozimbye, nʼabatayogera nʼabalala bangi ne babassa we yali nʼabawonya. Abantu bangi ne beewuunya, nga balaba ababadde batayogera nga boogera, nʼababadde bakoozimbye nga bawonye, nʼababadde abalema nga batambula, nʼababadde abazibe bʼamaaso nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.

Awo bwe yatuuka awaali ekibiina, omusajja nʼajja gyʼali nʼafukamira we yali, nʼamugamba nti, “Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi. Bwe namuleese eri abayigirizwa bo tebasobodde kumuwonya.” Yesu nʼaddamu nti, “Mmwe omulembe ogutalina kukkiriza omubi. Ndituusa ddi okubeera nammwe? Ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Kale mumundeetere wano.” Yesu nʼaboggolera dayimooni, nʼava ku mulenzi, omulenzi nʼawona mu kiseera ekyo.

Yesu nʼabaddamu nti, “Olwʼokukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba nʼokukkiriza okufaanana ngʼakaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa.

Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ngʼogongobadde oba ngʼolemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ngʼolina emikono ebiri nʼebigere bibiri. Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ngʼolina eriiso limu okusinga okugenda mu muliro gwa ggeyeena ngʼolina amaaso go gombi.”

Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ngʼomu ku bato bano ngʼazikirira.”

Abazibe bʼamaaso babiri abaali batudde ku mabbali gʼekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusaasire!” Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire.” Yesu bwe yabatuukako nʼayimirira nʼababuuza nti, “Mwagala mbakolere ki?” Ne bamuddamu nti, “Mukama waffe, twagala otuzibule amaaso.” Yesu nʼabasaasira nʼakwata ku maaso gaabwe amangwago ne gazibuka, ne bamugoberera.

Awo abazibe bʼamaaso nʼabalema ne bajja gyʼali mu Yeekaalu nʼabawonya.

Yesu nʼabaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwʼoba nʼokukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino nʼebisingawo. Oyinza nʼokulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo. Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”

“Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olwʼerinnya lyange. Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, nʼabalala baliryamu bannaabwe olukwe, nʼabalala ne bakyawagana. Era bannabbi abʼobulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi. Olwʼobujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola. Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa.

Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana. Singa ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde nʼomu alokolebwa. Naye olwʼabalonde be ennaku ezo zirikendezebwako.

nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’

Peetero nʼamugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe nʼafa, naye sijja kukwegaana nʼakamu kokka.” Nʼabayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo.

Nʼatwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, nʼatandika, okuwulira ennaku nnyingi nʼokweraliikirira ennyo. Nʼabagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.” Nʼabaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, nʼagwa wansi ngʼavuunise amaaso ge ku ttaka, nʼasaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bwʼoyagala.”

Awo Piraato nʼasumulula Balaba nʼabamuwa. Naye bwe yamala okukuba Yesu embooko nʼamuwaayo bamukomerere.

Bwe baamala okumukomerera, abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.

Ku ssaawa nga mwenda Yesu nʼayogerera waggulu nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, “Eri, Eri lama sabakusaani,” ekitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”

Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, nʼawowoggana, ngʼagamba nti “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.” Awo Yesu nʼaguboggolera ngʼagamba nti, “Sirika era muveeko.” Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako.

Ne basanga nga nnyina muka Simooni agalamidde mulwadde omusujja. Amangwago ne bakitegeeza Yesu. Bwe yamusemberera, nʼamukwata ku mukono nʼamuyimusa, omusujja ne gumuwonako, nʼabaweereza!

Awo obudde bwe bwali buwungeera, ngʼenjuba egwa, ne bamuleetera abalwadde bonna, nʼabaaliko dayimooni. Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku luggi. Era Yesu nʼawonya abalwadde bangi abaalina endwadde ezʼenjawulo era nʼabaaliko baddayimooni bangi nʼababagobako, ne baddayimooni teyabaganya kwogera, kubanga baali bamumanyi.

Awo nʼabuulira mu makuŋŋaaniro agʼomu kitundu kyonna ekyʼe Ggaliraaya, era nʼagoba ne baddayimooni. Awo omugenge nʼajja eri Yesu ne yeegayirira ngʼafukamidde mu maaso ge, nʼamugamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okunnongoosa.” Yesu nʼamusaasira, nʼagolola omukono gwe, nʼamukwatako, nʼamugamba nti, “Nsiimye, longooka!” Amangwago ebigenge ne bimuwonako, nʼaba mulongoofu.

Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ngʼasituliddwa abasajja bana. Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olwʼekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ngʼali ku katanda ke. Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, nʼagamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.” Naye abamu ku bannyonnyozi bʼamateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti, “Ono ayinza atya okwogera bwʼatyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?” Amangwago Yesu nʼamanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka nʼababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe? Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule? Naye mmwe okusobola okutegeera ngʼOmwana wʼOmuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” nʼagamba eyali akoozimbye nti, “Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.” Awo omusajja nʼasituka, amangwago nʼasitula akatanda ke nʼafuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”

Yesu bwe yakiwulira nʼabagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde! Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”

Awo Yesu nʼayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze. Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire. Yesu nʼagamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati.” Nʼabagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?” Naye ne batamuddamu. Yesu nʼabatunuulira ngʼakambuwadde era nga munakuwavu nnyo olwʼobukakanyavu bwʼemitima gyabwe, nʼagamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Nʼagolola omukono gwe, ne guwona.

Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olwʼendwadde zaabwe. Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.”

Nʼalonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. Nʼabawa nʼobuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi nʼababiri be yalonda be bano:

Ate ensigo ezaagwa ku kyaziyazi, gyʼemitima gyʼabantu abawulira ekigambo amangwago ne bakyaniriza nʼessanyu. Naye tebalina mirandira, babeera bulungi okusooka, naye olutuukibwako ebizibu oba okuyigganyizibwa olwʼekigambo amangwago babivaako.

Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta nʼamayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi. Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?” Nʼazuukuka nʼaboggolera omuyaga nʼagamba ennyanja nti, “Tteeka, sirika.” Omuyaga ne gusirika nʼennyanja nʼeteekera ddala. Nʼababuuza nti, “Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?”

Yesu bwe yali yaakava mu lyato omuntu eyaliko omwoyo omubi nʼajja gyʼali ngʼava mu malaalo. Omuntu ono yasulanga mu malaalo era yali alaluse nnyo nga tewakyali na muntu asobola kumusiba. Emirundi mingi baagezangako okumussa ku mpingu nʼokusiba amagulu ge nʼenjegere naye byonna ngʼabikutulakutula. Ne wataba na muntu wʼamaanyi ayinza kumusiba kumunyweza. Naye bulijjo yatambulanga emisana nʼekiro mu malaalo ne mu nsozi. Yawowoggananga nga bwʼakaaba era nga bwe yeesalaasala nʼamayinja. Awo bwe yalengera Yesu ngʼakyali walako ku nnyanja nʼadduka nʼagenda eryato we lyagoba, nʼasinza Yesu. Nʼaleekaana nnyo nti, “Onjagaza ki, ggwe Yesu, Omwana wa Katonda, Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayirira, olwʼekisa kya Katonda, tombonyaabonya.” Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi okuva ku musajja. Awo Yesu nʼamubuuza nti, “Erinnya lyo ggwʼani?” Nʼaddamu nti, “Erinnya lyange nze Ligyoni, kubanga tuli bangi.” Nʼamwegayirira nnyo aleme okumugoba mu kitundu ekyo. Awo waaliwo eggana lyʼembizzi nnyingi nnyo ku lusozi nga zirya. Omwoyo omubi ne gwegayirira Yesu nti, “Tusindike mu mbizzi ziri.” Yesu nʼabakkiriza, ne bava ku musajja ne bayingira mu ggana lyʼembizzi. Awo eggana lyʼembizzi lyonna ne liserengetera ku kagulungujjo ne lyeyiwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.

Mu kibiina omwo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi nʼebiri nga mulwadde ekikulukuto kyʼomusaayi. Yali yeewuubye mu basawo bangi abaamujanjabanga okumala emyaka egyo gyonna; ne byonna bye yalina nga bimuweddeko, obulwadde ne butawona wabula okweyongera obweyongezi. Yali awulidde ebikwata ku Yesu. Bwʼatyo nʼajja nga yeenyigiriza mu kibiina kyʼabantu nʼatuuka emabega wa Yesu, nʼakoma ku kyambalo kye. Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nzija kuwona.” Awo olwakikomako, amangwago ekikulukuto kyʼomusaayi ne kikalira nʼategeerera ddala ngʼawonye.

Naye yali akyayogera nʼomukazi ababaka ne batuuka nga bava mu maka ga Yayiro ne bamubikira nti, “Omuwala afudde, noolwekyo tekikyetaagisa kuteganya Muyigiriza.” Yesu nʼawulira ebigambo ebyayogerwa wabula nʼagamba omukulu wʼekkuŋŋaaniro nti, “Totya, ggwe kkiriza bukkiriza.” Awo Yesu nʼaziyiza ekibiina kyonna okugenda naye, okuggyako Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda wa Yakobo. Bwe baatuuka mu nju yʼomukulu wʼekkuŋŋaaniro, nʼalaba okwaziirana ngʼabantu bakaaba nga bakuba ebiwoobe. Bwe yayingira mu nju nʼagamba abantu nti, “Mwaziiranira ki nʼokukuba ebiwoobe? Omwana tafudde naye yeebase bwebasi!” Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo. Naye nʼabagamba bonna bafulume mu nju. Nʼatwala abazadde bʼomwana nʼabayigirizwa be abasatu nʼayingira nabo mu kisenge omwana mwe yali. Yesu nʼakwata omwana ku mukono nʼamugamba nti, “Talisa kumi!” amakulu nti, “Omuwala golokoka!” Amangwago omuwala eyali aweza emyaka kkumi nʼebiri, nʼayimirira nʼatambulatambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo.

Naye teyakolerayo byamagero binene okuggyako abalwadde abatonotono be yakwatako nʼabawonya.

Ne bagoba baddayimooni bangi ku bantu, ne basiiga abalwadde amafuta ne babawonya.

Ne babuna mu bitundu ebyali biriraanyeewo nga bamuleetera abalwadde nga basituliddwa ku butanda. Wonna wonna gye yagendanga, mu byalo, mu bibuga, mu butale ne ku nguudo ne baleeta abalwadde ne bamwegayirira waakiri bakwateko bukwasi ku lukugiro lwʼekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako ne bawona.

Omukazi eyalina muwala we ngʼaliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, nʼajja eri Yesu, nʼagwa ku bigere bye. Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, nʼamwegayirira agobe dayimooni ku mwana we. Yesu nʼagamba omukazi nti, “Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere yʼomwana nʼekasukirwa embwa.” Naye omukazi nʼamuddamu nti, “Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era nʼembwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani zʼabaana.” Yesu nʼamugamba nti, “Olwʼekigambo ekyo, weddireyo eka, kubanga dayimooni avudde ku muwala wo.” Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.

Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu wʼamatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye. Yesu nʼaggya omusajja mu bantu nʼamulaza wabbali, nʼassa engalo ze mu matu gʼomusajja; nʼawanda amalusu, nʼagasiiga nʼolunwe lwe ku lulimi lwʼomusajja. Awo Yesu nʼatunula waggulu nʼassa ekikkowe, nʼalyoka alagira omusajja nti, “Efasa!” ekitegeeza nti, “Gguka.” Amangwago amatu gʼomusajja ne gagguka nʼawulira buli kintu era nʼayogera bulungi! Yesu nʼakuutira ekibiina baleme kutegeezaako balala ku bigambo ebyo okubisaasaanya, naye bo ne beeyongera okutegeeza. Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, “Buli kyʼakola kya kyewuunyo, aggula nʼamatu ga bakiggala nʼayogeza ne bakasiru!”

Awo bwe baatuuka mu Besusayida, ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe wʼamaaso, ne bamwegayirira amukwateko. Yesu nʼakwata omuzibe wʼamaaso ku mukono nʼamufulumya ebweru wʼakabuga ako. Nʼawanda amalusu ku maaso gʼomusajja nʼagakwatako, nʼamubuuza nti, “Kaakano waliwo kyʼolaba?” Omusajja nʼamagamaga, nʼaddamu nti, “Yee! Ndaba abantu kyokka balabika ngʼemiti egitambula.” Yesu nʼayongera okukwata ku maaso gʼomusajja, omusajja nʼazibuka amaaso nʼawonera ddala buli kintu nʼakiraba bulungi.

Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo nʼagamba nti, “Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi. Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, nʼabimba ejjovu ku mimwa nʼaluma amannyo, olwo yenna nʼakakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa.” Yesu nʼagamba nti, “Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano.” Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bwʼabimba nʼejjovu ku mimwa. Yesu nʼabuuza kitaawe wʼomwana nti, “Kino kimaze bbanga ki?” Kitaawe nʼaddamu nti, “Okuviira ddala mu buto. Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina kyʼosobola okutukolera, tusaasire.” Yesu nʼamuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.” Amangwago Kitaawe wʼomwana nʼayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!” Yesu bwe yalaba ngʼekibiina kyeyongera obunene, nʼaboggolera dayimooni nti, “Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gwʼamatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga.” Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako nʼaba ngʼafudde, bangi ne balowooza nti afudde. Naye Yesu nʼamukwata ku mukono nʼamuyimiriza.

Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Okuba nʼomukono ogumu nʼoyingira mu bulamu kisinga okuba nʼemikono ebiri nʼolaga mu ggeyeena, envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira. Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema nʼoyingira mu bulamu kisinga okuba nʼebigere ebibiri nʼolaga mu ggeyeena envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira. Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ngʼoli wa liiso limu okusinga okubeera nʼamaaso go gombi, nʼosuulibwa mu ggeyeena, envunyu gye zitafa nʼomuliro gye gutazikira.

Awo Yesu nʼabayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe wʼamaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali gʼoluguudo. Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, nʼatandika okuleekaana nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!” Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, “Sirika! Totuleekaanira!” Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ngʼaddiŋŋana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!” Yesu nʼayimirira nʼayogera nti, “Mumuyite.” Ne bayita omuzibe wʼamaaso nti, “Guma omwoyo, situka akuyita!” Battimaayo nʼasuula eri ekikooti kye, nʼasituka mangu nʼajja eri Yesu. Yesu nʼamubuuza nti, “Oyagala nkukolere ki?” Omuzibe wʼamaaso nʼaddamu nti, “Ayi Omuyigiriza, njagala nsobole okulaba!” Awo Yesu nʼamugamba nti, “Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangwago omusajja nʼazibuka amaaso, nʼagoberera Yesu.

Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Mukkiririze mu Katonda. Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, ‘Situka ogwe mu nnyanja,’ nʼatabuusabuusa mu mutima gwe, naye nʼaba nʼokukkiriza, kyʼayogedde kirituukirira. Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli.

“Mwekuume mmwe. Balibaawo mu mbuga zʼamateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali. Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna. Bwe bali bakwata ne babawaayo, temweraliikiriranga kya kuwoza. Kye munaaweebwanga okwogera mu kiseera ekyo kye munaayogeranga kubanga si mmwe muliba mwogera wabula Mwoyo Mutukuvu yʼaliba ayogerera mu mmwe.” “Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe wʼomwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe ne babatta. Mulikyayibwa abantu bonna, olwʼerinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero yʼalirokolebwa.”

Peetero nʼakiggumiza nnyo ngʼagamba nti, “Ne bwe kinanneetaagisa okufiira awamu naawe, siikwegaane.” Nʼabalala bonna ne beerayirira bwe batyo.

Nʼatwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana; nʼatandika okweraliikirira nʼokuteganyizibwa mu mutima. Nʼabagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi nnyo zaagala na kunzita, kale mubeere wano mukuume.” Ne yeeyongerako mu maaso katono, nʼagwa wansi nʼasaba obanga kisoboka, essaawa eyo, ereme kutuuka. Nʼasaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gyʼoli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bwʼoyagala.”

Awo Piraato okusanyusa ekibiina, nʼabasumululira Balaba. Nʼawaayo Yesu akomererwe ngʼamaze okumukuba.

Awo ne bamukomerera ku musaalaba. Ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. Baamukomerera ku ssaawa ssatu ezʼenkya.

Awo Yesu nʼakoowoola nʼeddoboozi eddene nti, “Eroi, Eroi, lama, sabakusaani?” Amakulu nti, “Katonda wange, Katonda wange, Lwaki onjabulidde?”

Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya. Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.”

“Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, nʼabazibe bʼamaaso okuzibulwa amaaso balabe, nʼabanyigirizibwa okufuna eddembe,

Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko dayimooni nʼatandika okuwowoggana nti, “Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu owʼe Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.” Yesu nʼamuboggolera ngʼagamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni nʼasuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, nʼamuvaako nga tamulumizza. Buli muntu nʼatya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira nʼobuyinza nʼamaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.”

Awo Yesu bwe yava mu kkuŋŋaaniro, nʼalaga mu maka ga Simooni. Yasanga nnyina mukazi wa Simooni omusujja gumuluma nnyo, abantu ne bamwegayiririra ku lulwe. Yesu nʼayimirira okumpi nʼomulwadde we yali, nʼalagira omusujja gumuwoneko, amangwago omulwadde nʼawona, nʼasituka nʼabaweereza!

Obudde bwe bwali buwungeera, abantu bonna abaalina abalwadde abʼendwadde eza buli ngeri, ne babaleeta eri Yesu, nʼabassaako emikono buli omu nʼamuwonya.

Mu kibuga Yesu mwe yali akyadde mwalimu omusajja eyali alwadde ebigenge. Bwe yalaba Yesu nʼavuunama mu maaso ge, nʼamwegayirira nti, “Mukama wange, bwʼoba ngʼoyagala, oyinza okunnongoosa.” Yesu nʼagolola omukono gwe nʼamukwatako, ngʼagamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago ebigenge byʼomusajja ne bimuwonako.

Naye ne yeeyongera bweyongezi okubunya ettutumu lyʼobuyinza bwa Yesu era ebibiina binene ne bikuŋŋaana okumuwulira nʼokuwonyezebwa endwadde zaabwe.

Lwali lumu Yesu yali ayigiriza abakulembeze bʼAbayudaaya, nʼabannyonnyozi bʼamateeka nabo nga batudde awo, abaali bavudde mu buli kyalo ekyʼe Ggaliraaya ne Buyudaaya era nʼe Yerusaalemi. Amaanyi ga Mukama gaali ku ye okuwonya. Awo abasajja ne bajja nga basitudde omusajja ku katanda eyali akoozimbye. Ne bagezaako okumuyingiza okumuleeta Yesu we yali. Naye bwe bataasobola kumuyingiza olwʼekibiina ekinene ne balinnya waggulu ku kasolya, ne baggyawo ku mategula ne bayisaamu omulwadde ne bamussa ngʼagalamidde ku katanda ke ne baamutereereza ddala mu maaso ga Yesu. Awo Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, nʼagamba omusajja akoozimbye nti, “Omusajja, ebibi byo bikusonyiyiddwa.” Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani avvoola! Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?” Nate Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, nʼababuuza nti, “Lwaki mulowooza bwe mutyo mu mutima gwammwe? Ekyangu kye kiri wa? Okwogera nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti situka otambule? Naye mulyoke mutegeere nti, Omwana wʼOmuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Nʼagamba eyali akozimbye nti, “Situka, ositule akatanda ko, weddireyo ewuwo.” Amangwago omusajja nʼasituka nʼasitula akatanda kwe yali agalamidde, nʼaddayo ewuwe ngʼagulumiza Katonda.

Yesu nʼabaanukula nti, “Abalwadde be beetaaga omusawo, so si abo abatali balwadde. Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi okwenenya.”

Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ngʼayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu nʼomusajja eyalina omukono ogukaze. Abannyonnyozi bʼamateeka nʼAbafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko nʼekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango. Naye Yesu nʼategeera ebirowoozo byabwe. Nʼagamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Situka oyimirire wakati wano.” Nʼasituka nʼayimirira. Yesu nʼalyoka agamba Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka nti, “Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?” Nʼabeetoolooza amaaso kinnoomu, nʼalyoka agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Omusajja nʼagolola omukono gwe ne guwona.

Awo Yesu bwe yava ku lusozi awamu nabo, nʼayimirira wansi wʼolusozi mu lusenyi awatereevu, ekibiina kinene ekyʼabayigirizwa be, nʼekibiina kinene ekyʼabantu abaava mu Buyudaaya yonna ne Yerusaalemi nʼebitundu ebyʼoku lubalama lwʼennyanja olwa Ttuulo ne Sidoni, ne bajja okumuwuliriza nʼokuwonyezebwa endwadde zaabwe. Abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi ne bawonyezebwa; era abantu bonna ne bafuba okumukwatako, kubanga amaanyi agawonya gaamuvangamu nga gawonya buli muntu.

Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano, kubanga mulikkusibwa. Mulina omukisa abakaaba kaakano, kubanga muliseka. Mulina omukisa bwe babakyawa, ne babeewala, ne babavuma, ne basiiga erinnya lyammwe enziro, olwʼOmwana wʼOmuntu.” “Musanyukanga ku lunaku olwo ne mujaguza, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga ebintu ebyo bajjajjammwe baabikola bannabbi abaabasooka.

Mu kiseera ekyo, omukulu wʼekitongole kyʼabaserikale ekikumi, yalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali mulwadde nnyo ngʼali kumpi nʼokufa. Omukulu wʼekitongole oyo bwe yawulira ebifa ku Yesu, nʼatuma abamu ku bakulembeze bʼAbayudaaya eri Yesu bamusabe ajje awonye omuddu we. Bwe baatuuka eri Yesu ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti, “Omusajja ono asaanira okuyambibwa nga bwʼakusabye, kubanga ayagala nnyo eggwanga lyaffe, era ye yatuzimbira ne kkuŋŋaaniro lyaffe!” Bwʼatyo Yesu nʼagenda nabo. Naye Yesu bwe yali akyali mu kkubo nga tannatuuka ku nnyumba, omukulu wʼekitongole nʼatuma mikwano gye eri Yesu ngʼagamba nti, “Mukama wange, teweeteganya bwʼotyo, kubanga nze sisaanira kukusembeza mu nju yange. Era kyenavudde nnema okujja gyʼoli nze nzennyini. Naye yogera bwogezi kigambo, omuweereza wange anaawona! Kubanga nange nnina abakulu abantwala, ate waliwo nʼabali wansi wange be nninako obuyinza. Bwe ŋŋamba ono nti, ‘Genda,’ agenda, nʼoli nti, ‘Jjangu,’ ajja; nʼomuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.” Yesu bwe yawulira ebigambo ebyo nʼamwewuunya nnyo, nʼakyukira ekibiina kyʼabantu abaali bamugoberera nʼagamba nti, “Mbagamba nti Sirabanga kukkiriza kunene nga kuno, wadde mu Isirayiri.” Awo omukulu wʼekitongole be yatuma eri Yesu bwe baddayo mu nnyumba ye, baasanga omuddu awonye.

Bwe yali asemberera omulyango gwʼekibuga, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga nga beettisse omulambo gwʼomuvubuka eyali mutabani wʼomukazi nnamwandu, ate nga ye mwana we yekka. Ekibiina kyʼabantu abaali bava mu kibuga baali bangi nnyo. Awo Mukama waffe bwe yalaba nnamwandu nʼamusaasira, nʼamugamba nti, “Tokaaba.” Nʼasemberera essanduuko, abaali bagisitudde ne bayimirira, Yesu nʼayogera nti, “Omuvubuka, nkulagira nti Ggolokoka!” Eyali afudde nʼatuula era nʼatandika okwogera. Yesu nʼamuddiza nnyina.

Mu kiseera ekyo Yesu nʼawonya endwadde nnyingi eza buli ngeri: nʼabalema, nʼabaaliko emyoyo emibi, nʼazibula nʼabazibe bʼamaaso. Abaatumibwa nʼabaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe bʼamaaso bazibulwa amaaso ne balaba, nʼabalema batambula, nʼabagenge balongoosebwa, nʼabaggavu bʼamatu gagguka ne bawulira, nʼabafu bazuukizibwa, era nʼabaavu babuulirwa Enjiri.

Waaliwo nʼabakazi Yesu be yali agobyeko emyoyo emibi ne be yali awonyezza endwadde. Mu bo mwe mwali ne Maliyamu eyayitibwanga Magudaleene gwe yagobako baddayimooni omusanvu,

Bwe baali baseeyeeya Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogwʼamaanyi ne gukunta ku nnyanja, nʼeryato ne liyuuga nnyo, ne baba mu kabi kanene. Abayigirizwa ne bamuzuukusa, ne bagamba nti, “Mukama waffe, Mukama waffe, tusaanawo!” Nʼazuukuka nʼaboggolera omuyaga nʼamazzi agaali geefuukudde. Ne bikkakkana, ennyanja nʼetteeka! Nʼalyoka abagamba nti, “Okukkiriza kwammwe kuluwa?” Ne batya, ne beewuunya nnyo, ne bagambagana nti, “Omuntu ono ye ani? Alagira omuyaga nʼamazzi ne bimugondera!”

Awo ne bagoba emitala wʼeri mu nsi yʼAbageresene eyolekedde Ggaliraaya. Awo Yesu bwe yava mu lyato omusajja eyaliko baddayimooni nʼajja okumusisinkana ngʼava mu kibuga. Omusajja oyo yali amaze ebbanga ddene nga tayambala ngoye, nga tasula na mu nju, wabula ngʼasula mu ntaana. Awo bwe yalaba Yesu nʼawowoggana nʼagwa wansi mu maaso ga Yesu, nʼaleekaana nti, “Onjagaza ki, Yesu, Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayiridde tombonyaabonya!” Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku musajja oyo. Emirundi mingi yalumbibwanga nʼamaanyi mangi, ne bwe baamusibanga nʼenjegere, nʼakuumibwa mu masamba, yabikutulanga, ddayimooni nʼamulaza mu ddungu. Awo Yesu nʼabuuza omusajja nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” Omusajja nʼaddamu nti, “Nze Ligyoni,” kubanga omusajja yaliko baddayimooni bangi. Baddayimooni ne beegayirira Yesu aleme okubagobera mu bunnya obutakoma. Waaliwo eggana lyʼembizzi, awo ku lusozi, nga lirya, baddayimooni ne beegayirira Yesu abasindike mu mbizzi ezo. Yesu nʼabakkiriza. Baddayimooni ne bava ku musajja ne bayingira mu mbizzi, amangwago eggana lyonna ne lifubutuka nga liserengeta olusozi, ne lyewanula ku bbangabanga, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.

Mu kibiina kyʼabantu ekyo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi nʼebiri ngʼalwadde ekikulukuto kyʼomusaayi. Yali atambudde nnyo mu basawo era nga bamumazeeko ebintu bye byonna ngʼabasasula, naye ne watabaawo asobola kumuwonya. Omukazi ono nʼasemberera Yesu ngʼamuvaako emabega, nʼakoma ku lukugiro lwʼekyambalo kya Yesu, ekikulukuto kyʼomusaayi ne kiwona mu kaseera ako kennyini!

Awo Yesu bwe yali ngʼakyayogera omuntu nʼatuuka ngʼava mu maka gʼomukulu wʼekkuŋŋaaniro, nʼagamba Yayiro nti, “Muwala wo afudde! Omuyigiriza toyongera kumuteganya.” Naye Yesu bwe yakiwulira nʼamugamba nti, “Totya! Kkiriza bukkiriza, ajja kuba mulamu.” Awo Yesu bwe yatuuka ku nnyumba ya Yayiro, nʼatakkiriza bantu balala kuyingira naye mu nju wabula Peetero, ne Yokaana, ne Yakobo, ne kitaawe wʼomwana, ne nnyina. Mu kiseera ekyo abantu bonna baali bakaaba nga bakungubagira omwana oyo. Yesu nʼabagamba nti, “Mulekeraawo okukaaba! Omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi!” Ne bamusekerera nnyo, kubanga bonna baali bamanyi ngʼomuwala afudde. Naye Yesu nʼakwata omuwala eyali afudde ku mukono, nʼakoowoola ngʼagamba nti, “Omuwala, golokoka!” Amangwago nʼaba mulamu, nʼasituka nʼayimirira. Yesu nʼabalagira bamuwe ekyokulya.

Awo olunaku lwali lumu Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri bonna awamu, nʼabawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu nʼokuwonya endwadde. Nʼabatuma bagende bategeeze abantu ebigambo byʼobwakabaka bwa Katonda era bawonye nʼabalwadde.

Ne bagenda nga bava mu kibuga ekimu nga badda mu kirala, nga babuulira Enjiri buli wamu era nga bawonya.

Naye ebibiina bwe baakitegeera ne kimugoberera. Yesu nʼabaaniriza, nʼabayigiriza ebigambo ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda, nʼabaali abalwadde nʼabawonya.

Omusajja eyali mu kibiina nʼayogerera waggulu ngʼagamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina. Kubanga dayimooni buli bbanga amukwata nʼamuwowogganya, era nʼamukankanya nʼabimba ejjovu nʼamusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi. Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.” Awo Yesu nʼaddamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.” Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni nʼamusuula wansi nʼamukankanya nnyo. Yesu nʼaboggolera omwoyo omubi nʼawonya omwana, nʼamuddiza kitaawe.

Muwonyenga abalwadde abalimu, era mugambenga abantu abo nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’

Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ezʼobusagwa nʼokuwangula amaanyi gonna agʼomulabe. Era tewali kigenda kubakola kabi.

Yesu nʼamuddamu nti, “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ngʼaserengeta e Yeriko, nʼagwa mu banyazi, ne bamukwata ne bamwambulamu engoye ze ne bazimutwalako, ne bamukuba nnyo, ne bamuleka awo ku kkubo ngʼabulako katono okufa. Awo kabona eyali tategedde nʼajjira mu kkubo eryo, naye bwe yatuuka ku musajja ngʼagudde awo ku kkubo nʼamwebalama bwebalami nʼamuyitako. Omuleevi naye yamutuukako nʼamulaba, nʼadda ku ludda olulala olwʼoluguudo, nʼamuyitako buyisi Naye Omusamaliya bwe yali ngʼali ku lugendo lwe mu kkubo eryo, nʼatuuka omusajja we yali; bwe yamulaba nʼamukwatirwa ekisa, nʼajja wʼali, nʼamunyiga ebiwundu ngʼayiwako amafuta, ne wayini ebiwundu nʼabisibako ebiwero. Awo nʼateeka omusajja ku nsolo ye nʼamutwala mu nnyumba esulwamu abatambuze, nʼamujjanjaba.

Lwali lumu Yesu nʼagoba dayimooni ku musajja eyali tayogera. Dayimooni bwe yamuvaako, omusajja oyo nʼayogera, ekibiina ne kyewuunya.

Enkazaluggya ettaano tezigula sente amakumi abiri gokka? Naye Katonda tazeerabira wadde emu bwʼeti. Era amanyi enviiri eziri ku mutwe gwo nga bwe zenkana obungi. Temutya kubanga mmwe muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.

Awo Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Noolwekyo temweraliikiriranga lwa bulamu bwammwe oba mmere gye munaalya oba engoye ezʼokwambala. Kubanga omwoyo gusinga wala emmere nʼomubiri gusinga ebyokwambala. Mulowooze ku namuŋŋoona, tezisiga so tezikungula, era tezirina na mawanika mwe zitereka mmere yaazo, naye Katonda aziriisa. Naye mmwe muli ba muwendo nnyo okukira ennyonyi ezo! Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongera ku myaka gye akatundu nʼakamu? Obanga temusobola kukola kantu katono ngʼako, kale kikugasa ki okweraliikirira ebintu ebirala? “Mutunuulire amalanga bwe gakula! Tegategana wadde okulanga ewuzi zʼengoye, naye mbategeeza nti Ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. Kale, obanga Katonda ayambaza bwʼatyo omuddo ogwʼomu nsiko, omuddo obuddo ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, naye ate talisingawo nnyo okwambaza mmwe abʼokukkiriza okutono! Temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga nʼakatono. Kubanga ebintu ebyo byonna amawanga ge biyaayaanira, naye Kitammwe amanyi nga mubyetaaga. Naye munoonye obwakabaka bwe, nʼebintu ebyo mulibyongerwako. “Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka.

Mutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gyʼatasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera. Kubanga obugagga bwammwe gye buli, nʼomutima gwammwe gye gunaabeeranga.

ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola. Yesu nʼamulaba, nʼamuyita nʼamugamba nti, “Mukazi wattu, owonyezeddwa obulwadde bwo.” Nʼamukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola nʼayimirira bulungi, nʼatendereza Katonda!

Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bwʼamazeemu emyaka ekkumi nʼomunaana?”

Yesu nʼabaddamu nti, “Mugende mugambe ekibe ekyo nti laba ngoba baddayimooni, nʼokuwonya abalwadde, leero, nʼenkya, era ku lunaku olwokusatu ndimaliriza.

Waaliwo omusajja omulwadde wʼentumbi ngʼatudde okwolekera Yesu we yali. Awo Yesu nʼabuuza Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka nti, “Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?” Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, nʼamuwonya, nʼamugamba yeetambulire.

Naye bwʼofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, nʼabagongobavu, nʼabalema ne bamuzibe.

Awo Yesu nʼabagamba nti, “Waaliwo omusajja omugagga ennyo, eyayambalanga engoye ezʼeffulungu ne linena era bulijjo ngʼabeera mu masanyu era ngʼalya ebyassava. Waaliwo nʼomusajja omwavu erinnya lye nga ye Laazaalo nga mulwadde ngʼajjudde amabwa ku mubiri gwe, eyateekebwanga ku mulyango gwʼomusajja omugagga. Laazaalo ne yeegombanga okulya obukunkumuka obwagwanga wansi nga buva ku mmeeza ya nnaggagga. Nʼembwa zajjanga ne zikomberera amabwa ga Laazaalo. “Ekiseera kyatuuka omusajja omwavu nʼafa, bamalayika ne bamutwala mu kifuba kya Ibulayimu. Oluvannyuma nʼomugagga naye nʼafa, nʼaziikibwa. Naye ngʼali eyo mu magombe mu kubonaabona, nʼatunula waggulu nʼalaba Laazaalo ngʼali mu kifuba kya Ibulayimu. Nʼakoowoola nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!’ “Naye Ibulayimu nʼamuddamu nti, ‘Mwana wange, jjukira nga mu biseera byo ngʼokyali mulamu wafuna ebirungi bye weetaaganga, naye nga Laazaalo ye afuna bibi. Kaakano Laazaalo asanyusibwa naye gwe oli mu kubonaabona. Ate nʼekirala, wakati waffe nammwe waliwo olukonko luwanvu nnyo olutwawula, omuntu ali eno bwʼayagala okujja eyo akoma awo ku mugo gwalwo, nʼoyo ali eyo ayagala okujja eno tasobola.’ “Awo nnaggagga nʼayaziirana nti, ‘Ayi kitange Ibulayimu, nkwegayiridde ntumira Laazaalo oyo mu maka ga kitange, kubanga nninayo abooluganda bataano, abandabulire, bwe balifa baleme kujja mu kifo kino ekirimu okubonaabona okwenkanidde wano.’ Naye Ibulayimu nʼamugamba nti, ‘Balina Musa ne bannabbi, kale bawulire abo.’ “Omugagga nʼaddamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ngʼava mu bafu, bajja kwenenya.’ “Awo Ibulayimu nʼamugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’ ”

Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako ne bakoowoola mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!” Yesu bwe yabalaba nʼabagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu. Omu ku bo bwe yalaba ngʼawonye nʼakomawo eri Yesu nga bwʼaleekaanira waggulu ngʼatendereza Katonda.

Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya.

Awo Yesu bwe yali ngʼasemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe wʼamaaso eyali atudde ku kkubo ngʼasabiriza. Awo omusajja oyo bwe yawulira ngʼekibiina kyʼabantu bayitawo, nʼabuuza nti, “Kiki ekyo?” Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo.” Omuzibe wʼamaaso nʼakoowoola nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!” Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Omwana wa Dawudi, onsaasire!” Awo Yesu nʼayimirira, nʼalagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu nʼamubuuza nti, “Kiki kyʼoyagala nkukolere?” Omusajja nʼaddamu nti, “Mukama wange, njagala nziremu okulaba!” Yesu nʼamugamba nti, “Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza.” Amangwago nʼaddamu okulaba, nʼagoberera Yesu ngʼatendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.

Kubanga Omwana wʼOmuntu, yajjirira kunoonya nʼokulokola abaabula.”

era tebaddayo kufa nate, kubanga baba nga bamalayika. Era baba baana ba Katonda kubanga baba bazuukizibbwa mu bulamu obuggya,

“Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lwʼerinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera. Kiribaviiramu okufuna omukisa okuba abajulirwa bange. Naye temweraliikiriranga gye muliggya ebigambo ebyʼokuwoza, Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo nʼamagezi ebiriremesa nʼabalabe bammwe okubaako nʼekyʼokuddamu! Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe. Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange. Naye nʼoluviiri olumu bwe luti olwʼoku mitwe gyammwe terulizikirira.

Naye mmwe mubadde wamu nange mu biseera bino ebyʼokugezesebwa kwange,

“Simooni, Simooni, Setaani asabye okukuwewa ngʼeŋŋaano, naye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bwʼolimala okwenenya, yamba mu kuzimba nʼokunyweza okukkiriza kwa baganda bo.” Awo Peetero nʼaddamu nti, “Mukama wange, neeteeseteese okusibirwa awamu naawe mu kkomera, era nʼokufiira awamu naawe.”

Yali mu kunyolwa kunene nnyo okwʼomwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo nʼatuuyana nʼentuuyo ezamuvaamu ne ziba ngʼamatondo gʼomusaayi, era ne gatonnya wansi.

Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu nʼabamenyi bʼamateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo nʼomulala ku ludda olwa kkono. Yesu nʼagamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.

Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti Olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”

Awo Yesu nʼayogerera waggulu nʼeddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba nti, “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, nʼafa.

“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.

Yesu nʼakomawo mu Kaana ekyʼe Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti owʼe Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde. Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, nʼagenda gyʼali nʼamusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi nʼokufa. Yesu nʼamugamba nti, “Temusobola kunzikiriza nga temulabye ku bubonero na byamagero?” Omukungu nʼamugamba nti, “Mukama wange, nkusaba oserengete ojje ngʼomwana wange tannafa!” Awo Yesu nʼamugamba nti, “Ggenda mutabani wo awonye!” Omusajja nʼakkiriza Yesu kyʼamugambye nʼagenda. Naye bwe yali ngʼakyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti Mutabani we awonye. Nʼababuuza ekiseera omulenzi we yassuukidde. Ne bamuddamu nti, “Jjo olwʼeggulo essaawa nga musanvu omusujja ne gumuwonako!” Awo Kitaawe wʼomulenzi nʼajjukira nga kyʼekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo nʼabʼenju ye bonna ne bakkiriza.

Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe bʼamaaso, nʼabakoozimbye. Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama nʼajja nʼatabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ngʼamazzi gaakatabulwa, ngʼawonyezebwa. Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana. Yesu bwe yamulaba nʼamanya nga bwʼamaze ebbanga eddene nga mulwadde, nʼamubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?” Omusajja omulwadde nʼamuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ngʼamazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ngʼomulala yansoose dda.” Yesu nʼamugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.” Amangwago omusajja nʼawonyezebwa. Nʼazingako omukeeka gwe ne yeetambulira. Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti.

Oluvannyuma lwʼebyo Yesu nʼamulaba mu Yeekaalu, nʼamugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.”

Ekibiina kyʼabantu kinene ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyamagero bye yakola ngʼawonya abalwadde.

Yesu nʼabaddamu nti, “Nze mmere eyʼobulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta. Naye nabagamba nti Mundabye naye era ne mutanzikiriza. Buli muntu Kitange gwʼampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru.

Awo Yesu nʼayongera okwogera nʼekibiina, nʼagamba nti, “Nze Musana gwʼensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga nʼomusana ogwʼobulamu.”

Awo Yesu bwe yali ngʼatambula, nʼalaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe wʼamaaso. Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe wʼamaaso?” Yesu nʼaddamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye. Kale kitugwanidde okukola emirimu gyʼoyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mwʼatasobolera kukola. Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.” Yesu bwe yamala okwogera bwʼatyo, nʼawanda amalusu ku ttaka nʼatabula, nʼalisiiga ku maaso gʼomusajja oyo. Nʼamugamba nti, “Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu,” amakulu nti, “Eyatumibwa”. Awo omusajja nʼagenda, nʼanaaba, nʼadda ngʼalaba.

Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso.

Omubbi kyʼajjirira kwe kubba nʼokutta nʼokuzikiriza. Nze najja, zibe nʼobulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu. “Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olwʼendiga.

Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali nʼomu ayinza kuzisikula mu mikono gyange, kubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange.

Yesu nʼamugamba nti, “Nze kuzuukira nʼobulamu; akkiriza nze newaakubadde ngʼafudde, aliba mulamu, na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe nʼemirembe. Ekyo okikkiriza?”

Maliyamu bwe yatuuka awali Yesu nʼafukamira ku bigere bye, nga bwʼagamba nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.” Yesu bwe yamulaba ngʼakaaba era nʼAbayudaaya abaali naye nga bakaaba nʼanyolwa mu mutima, nʼajjula obuyinike. Nʼabuuza nti, “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti, “Mukama waffe jjangu olabeyo.” Yesu nʼakaaba amaziga. Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Ngʼabadde amwagala nnyo!”

Yesu nʼagamba nti, “Muggyeewo ejjinja.” Naye Maliza, mwannyina wʼomufu, nʼamugamba nti, “Kaakano awunya nnyo, kubanga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.” Yesu nʼamuddamu nti, “Saakugambye nti Bwʼonokkiriza onoolaba ekitiibwa kya Katonda?” Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu nʼatunula waggulu nʼagamba nti, “Kitange nkwebaza olwʼokumpulira. Mmanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde olwʼabantu bano abayimiridde wano, balyoke bakkirize nti Ggwe wantuma.” Bwe yamala okwogera bwʼatyo, nʼakoowoola mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Laazaalo fuluma.” Awo Laazaalo nʼava mu ntaana, ngʼamagulu ge nʼemikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga nʼekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu nʼabagamba nti, “Mumusumulule atambule.”

“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize. Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye.

Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”

Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egyʼensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.

Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga. Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.

“Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire.

Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali nʼomu aliribaggyako. Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange. Kino mubadde temukikola, naye kaakano mukitandike. Musabe mu linnya lyange, mujja kuweebwa ekyo kye musaba, essanyu lyammwe liryoke lituukirire.

Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube nʼemirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi.”

Awo Piraato nʼatwala Yesu nʼamukuba embooko.

Piraato nʼabawa Yesu okumukomerera. Awo ne batwala Yesu; nʼafuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, nʼatuuka mu kifo ekiyitibwa ekyʼEkiwanga, mu Lwebbulaniya kiyitibwa Gologoosa. Ne bamukomerera ku musaalaba mu kifo ekyo. Era ne bakomerera nʼabalala babiri, omu eruuyi nʼomulala eruuyi, Yesu nʼabeera wakati waabwe.

Bwe yakombako nʼagamba nti, “Kiwedde.” Nʼakutamya omutwe gwe nʼawaayo obulamu bwe.

Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti, “Balimulaba oyo gwe baafumita.”

Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama, alirokolebwa.’ ”

Noolwekyo omutima gwange kyeguvudde gusanyuka, nʼolulimi lwange ne lukutendereza. Era nʼomubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi. Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira so toliwaayo mutukuvu wo. Wandaga amakubo gʼobulamu, era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’ ”

Naye Peetero nʼagamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!” Awo Peetero nʼakwata omulema ku mukono ogwa ddyo nʼamuyimusa, amangwago ebigere byʼomusajja nʼobukongovvule ne bifuna amaanyi, nʼabuuka nʼayimirira nʼatandika okutambula! Nʼayingira nabo mu Yeekaalu ngʼatambula era nga bwʼabuuka ngʼatendereza Katonda. Abantu bonna ne baamulaba ngʼatambula, era ngʼatendereza Katonda,

Abantu ne baleeta abalwadde baabwe ku nguudo zʼomu kibuga, ne babagalamizanga ku butanda ne ku bikeeka, ekisiikirize kya Peetero kibatuukeko ngʼazze. Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde nʼabaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.

Awo Kabona Asinga Obukulu, nʼabo abaali naye abʼomu kibiina kyʼAbasaddukaayo ne bajjula obuggya. Ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera lyʼabantu bonna. Naye mu kiro, malayika wa Mukama nʼajja nʼaggulawo enzigi zʼekkomera nʼabafulumya, nʼabagamba nti, “Mugende muyimirire mu Yeekaalu mutegeeze abantu bonna ebigambo ebyʼobulamu buno.”

Abatume ne bava mu Lukiiko nga basanyuka kubanga baasaanyizibwa okukwatibwa ensonyi nʼokubonaabona olwʼErinnya.

Naye Sawulo nʼakolerera okuzikiriza Ekkanisa; nʼagenda buli wantu ngʼakwata abasajja nʼabakazi nʼabatwala mu kkomera. Naye abakkiriza abadduka mu Yerusaalemi ne bagenda mu buli kifo nga babuulira Enjiri ya Yesu.

Ebibiina ne bimuwuliriza nnyo kubanga abantu bonna baalaba ebyamagero bye yakola. Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye nʼabalema bonna ne bawonyezebwa; ekibuga ne kijjula essanyu.

Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu nʼamaanyi, eyatambula ngʼagenda akola ebirungi, ngʼawonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.”

nʼamusiba mu kkomera, ngʼamutaddeko abaserikale abamukuuma kkumi na mukaaga mu bibinja bina ebyʼabaserikale banabana. Kerode yali ategese amuleete mu bantu, ngʼEmbaga yʼOkuyitako ewedde. Peetero nʼakuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa nʼenyiikira nnyo okumusabira eri Katonda. Ekiro ekyo, ngʼenkeera Kerode ategese okuwaayo Peetero, Peetero yali yeebase wakati wʼabaserikale babiri, ngʼasibiddwa nʼenjegere bbiri, nga ne ku mulyango gwʼekkomera kuliko abakuumi. Laba malayika wa Mukama nʼayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika nʼakuba ku Peetero mu mbiriizi nʼamuzuukusa ngʼamugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi. Malayika nʼamugamba nti, “Weesibe olukoba lwo, oyambale nʼengatto zo.” Peetero nʼakola nga bwʼagambiddwa. Malayika nʼamugamba nti, “Kale, yambala omunagiro gwo ongoberere.” Awo Peetero nʼagoberera malayika. Naye ekiseera kino kyonna ngʼalowooza nti alabye kwolesebwa, nga tayinza kukitegeera nti byonna ebyali bimutuukako mu kaseera ako byaliwo ddala. Ne bayita ku bakuumi abasooka nʼabookubiri ne batuuka ku luggi olunene olwʼekyuma olufuluma mu kkomera nga luggukira mu kibuga. Luno ne lweggulawo lwokka, ne bayitamu. Bwe baatambulako akabanga mu luguudo mu kibuga, amangwago malayika nʼamuleka.

ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.”

Ekibiina kyʼabantu ne kibeeyiwako, abalamuzi ne balagira bambulwemu engoye era bakubwe emiggo. Bwe baamala okukubwa emiggo mingi, ne baggalirwa mu kkomera, era omukuumi wʼekkomera nʼakuutirwa abakuume butiribiri.

Omukulu wʼekkomera bwe yafuna ebiragiro ebyo, nʼabateekera ddala mu kkomera eryʼomunda, nʼamagulu gaabwe nʼagassa mu nvuba. Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba nʼennyimba ezʼokutendereza Katonda, nga nʼabasibe abalala bawuliriza, amangwago ne wabaawo musisi owʼamaanyi ennyo. Emisingi gyʼekkomera ne ginyeenyezebwa, nʼenzigi zʼekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era nʼenjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri! Omukuumi wʼekkomera nʼazuukuka, nʼalaba ngʼenzigi zonna nzigule, nʼalowooza nti Abasibe bonna badduse, nʼasowolayo ekitala kye yette! Naye Pawulo nʼaleekaana nti, “Teweekola kabi!” Omukuumi wʼekkomera nʼakankana nnyo ngʼajjudde entiisa nnyingi, nʼalagira ne baleeta ettaala, nʼafubutuka nʼayingira munda, nʼagwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ngʼakankana. Awo nʼabafulumya, nʼababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?”

Katonda nʼakozesanga Pawulo ebyʼamagero ebyʼekitalo. Obutambaala bwe nʼebiwero ebyʼengoye ze bwe byabikkibwanga ku balwadde nga bawona, era abaabangako baddayimooni nga babavaako.

nkoze omulimu gwa Mukama mmuweereza nʼobuwombeefu nʼamaziga nʼokugezesebwa ebyantukako olwʼenkwe zʼAbayudaaya.

“Ne kaakano laba nsibiddwa Mwoyo Mutukuvu, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi binaantukako nga ndi eyo. Wabula Mwoyo Mutukuvu antegeeza nti okusibibwa nʼokubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga. Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, nʼobuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri eyʼekisa kya Katonda.

Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola nʼamaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate nʼokujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”

Naye Pawulo nʼaddamu nti, “Lwaki mukaaba nʼokwagala okunnafuya omutima? Kubanga seeteeseteese kusibibwa kyokka, naye neetegese nʼokufiira mu Yerusaalemi olwʼerinnya lya Mukama waffe Yesu.” Bwe twalaba nga tekisoboka kumukkirizisa butagenda, ne tubivaako, ne tugamba nti, “Mukama kyʼayagala kye kiba kikolebwa.”

Mu kiseera ekyo kitaawe yali mulwadde omusujja ngʼalimu ekiddukano kyʼomusaayi. Pawulo nʼagenda gyʼali nʼamusabira, nʼamussaako emikono nʼamuwonya! Ekyo bwe kyabaawo, nʼabalwadde abalala bonna ku kizinga abaalina endwadde ne bajja gyʼali ne bawonyezebwa.

Tetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ngʼokubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza. Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, nʼembala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi. Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.

Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo nʼatufiirira. Kale obanga twaweebwa obutuukirivu olwʼomusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda. Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kwʼOmwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olwʼobulamu bwe? So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.

Ekibi kyajja mu nsi olwʼomuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri yʼemu olwʼokuba nga bonna baayonoona, bonna balifa.

Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olwʼekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya. Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi ekyʼokufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. Tumanyi kino nti omuntu waffe owʼedda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gwʼekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. Omuntu bwʼafa aba takyafugibwa kibi.

Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda. Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo. Temuwangayo bitundu byammwe ebyʼomubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ngʼabantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe ebyʼomubiri gwammwe bikozesebwe ebyʼobutuukirivu eri Katonda.

Kale mwagasibwa ki mu kukola ebintu ebyo, ebibaleetera ensonyi? Enkomerero yaabyo kufa. Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, nʼenkomerero bwe bulamu obutaggwaawo.

Empeera yʼekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa?

Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okwʼomubiri wabula ne bagoberera Omwoyo. Kubanga etteeka eryʼOmwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka lyʼekibi nʼokufa. Amateeka ga Musa kye gataayinza kukola, olwʼokunafuyizibwa omubiri, Katonda yakikola mu Mwana we yennyini bwe yamutuma mu kifaananyi kyʼomubiri ogwʼekibi, nʼasalira ekibi omusango mu mubiri. Ekyo kyabaawo, ebyʼobutuukirivu mu mateeka biryoke bituukirire mu ffe bwe tugondera Omwoyo, ffe abatatambulira mu mubiri naye abatambulira mu Mwoyo. Abo abalowooleza mu mubiri balowooza bintu bya mubiri, naye abalowooleza mu Mwoyo balowooza bya Mwoyo. Okulowooleza mu byʼomubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu nʼemirembe. Kubanga okulowooza ebyʼomubiri kya bulabe eri Katonda. Ebirowoozo ebyʼomubiri tebiyinza kuwulira mateeka ga Katonda. Nʼabo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda.

Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bwʼataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo. Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olwʼekibi, ate ngʼomwoyo gwammwe mulamu olwʼobutuukirivu. Era obanga Omwoyo wʼoyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu abeera mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo mu bafu, alifuula emibiri gyammwe egifa okuba emiramu ku bwʼOmwoyo we abeera mu mmwe.

Noolwekyo abooluganda tulina ebbanja, so si eri omubiri okugondera bye gutulagira. Kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa. Naye bwe munnatta ebikolwa ebyʼomubiri, muliba balamu, kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda. Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bwʼoyo tumukoowoola nti Aba, Kitaffe. Omwoyo yennyini akakasiza wamu nʼomwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda. Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.

Okubonaabona kwe tubonaabona kaakano kutono nnyo bwe kugeraageranyizibwa nʼekitiibwa ekiritubikulirwa. Ebitonde birindirira nʼessuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa. Kubanga ebitonde tebyafugibwa butaliimu nga byeyagalidde, wabula ku bwʼoyo eyabifugisa, mu kusuubira. Ebitonde birifuulibwa bya ddembe okuva mu kufugibwa okuvunda ne bigabanira wamu nʼabaana ba Katonda ekitiibwa ekyʼokuba mu ddembe. Tumanyi ngʼebitonde byonna bisinda era ne birumwa ngʼomukazi alumwa okuzaala bwʼabeera. Naye ate si ekyo kyokka, era naffe abalina ebibala ebibereberye ebyʼOmwoyo, naffe tusinda munda yaffe nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kwʼemibiri gyaffe. Twalokolebwa lwa ssuubi eryo. Naye essuubi erirabibwa si ssuubi; kubanga ani asuubira kyʼalabako? Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira nʼokugumiikiriza.

NʼOmwoyo bwʼatyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra nʼokusinda okutayogerekeka. Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo kyʼalowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ngʼokusiima kwa Katonda bwe kuli.

Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ngʼokuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olwʼobulungi. Kubanga abo be yamanya olubereberye, yabalonda okufaananyizibwa mu kifaananyi kyʼOmwana we, ye abeerenga omubereberye mu booluganda abangi. Abo be yalonda, nʼokubayita yabayita, nʼabo be yayita, yabawa obutuukirivu, nʼabo be yawa obutuukirivu yabagulumiza.

Kale tunaagamba ki ku bintu bino? Katonda bwʼabeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa? Oyo ataasaasira Mwana we ye, naye nʼamuwaayo ku lwaffe ffenna, talituwa buwi bintu byonna awamu naye? Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda yʼawa obutuukirivu. Ani alibasalira omusango? Kristo Yesu yafa, kyokka okusinga byonna yazuukizibwa, era ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼatwegayiririra.

Ani alitwawukanya nʼokwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwerere, oba kabi, oba kitala? Kyawandiikibwa nti: “Ku lulwo tutiisibwatiisibwa nʼokuttibwa obudde okuziba, era tubalibwa ngʼendiga ezʼokusalibwa.”

Naye mu bino byonna tuwangudde nʼokukirawo ku bwʼoyo eyatwagala. Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya nʼokwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.

Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange nga gunkakasa mu Mwoyo Mutukuvu, nga ndimunakuwavu nnyo era nga nnumwa mu mutima. Nnali njagala nze mwene nkolimirwe Katonda era njawukanyizibwe ku Kristo olwa baganda bange, bwe tuli abʼomu mubiri,

nga bwe kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako nʼolwazi olulibasuula. Oyo amukkiriza taliswazibwa.”

Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe yʼomu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.

Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olwʼokusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okwʼomwoyo.

nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba. Mufengayo ku byetaago byʼabantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi. Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga. Musanyukirenga wamu nʼabo abasanyuka, era mukaabirenga wamu nʼabo abakaaba.

Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama, oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. Kale nno bwe tuba abalamu oba bwe tufa, tuli ba Mukama. Kubanga ekyo Kristo kye yafiira ate nʼabeera omulamu, alyoke abeere Mukama wʼabo abaafa era nʼabalamu.

Kaakano Katonda wʼokusuubira, abajjuze essanyu lyonna nʼemirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi eryʼamaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.

Mu banafu nafuuka ngʼomunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa.

Kyokka Mukama bwʼatusalira omusango aba atukangavvula tuleme kusalirwa musango awamu nʼensi.

olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.

kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe. Kale nga bwe kiri mu Kkanisa zʼabatukuvu zonna,

Kuba ngʼabantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo.

Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa.

Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa. Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.” “Ggwe Kufa, obuwanguzi bwo buluwa? Ggwe Kufa, amaanyi go agalumya galuwa?”

Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe owʼokusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olwʼokugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi. Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bwʼatyo bwʼatuzzaamu amaanyi. Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu. Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.

Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde nʼessuubi eryʼokuba abalamu ne lituggwaamu. Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu, eyatuwonya mu kufa okwo okwʼentiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi eryʼokutuwonyanga.

Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya ebyʼebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe. Tunyigirizibwa erudda nʼerudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka, nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe. Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe. Kale nno okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.

Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ngʼemibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe owʼomunda adda buggya bulijjo. Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okwʼekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa ekyʼamaanyi ekyʼemirembe nʼemirembe. Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.

Kubanga tumanyi ngʼennyumba yaffe eyʼensiisira eyʼoku nsi bwʼerisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, eyʼolubeerera eyʼomu ggulu. Kubanga tusindira mu nnyumba eno, nga twegomba okwambazibwa ennyumba yaffe eriva mu ggulu.

Noolwekyo tulina obwesige bulijjo nga tumanyi nti bwe tuba mu mubiri guno, tetuba waffe, olwo nga tetuli na Mukama waffe. Kubanga tutambula lwa kukkiriza so si lwʼamaaso gaffe bye galaba. Noolwekyo tuli bagumu era tuli basanyufu, wakiri okuva mu mibiri guno ne tubeera ewaffe mu ggulu ne Mukama waffe.

Kubanga okwagala kwa Katonda kutuwaliriza, ngʼomu bwe yafiirira bonna, bonna kyebaava bafa. Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bwʼoyo eyabafiirira era nʼazuukira, okuva kaakano, tuleme okumanya omuntu yenna mu mubiri, bwe tuba nga ddala twamanya Kristo mu mubiri. Naye kaakano tetukyamumanyi bwe tutyo.

Noolwekyo omuntu yenna bwʼabeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; ebyʼedda nga bigenze, laba ngʼafuuse muggya.

naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okwʼokubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa, ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba, ne mu bulongoofu, ne mu kumanya, ne mu bugumiikiriza, ne mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bukuusa,

Ensi etusussa amaaso nga bʼetemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ngʼabaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa, nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ngʼabaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ngʼabatalina kintu naye ate nga tulina byonna.

Bino sibyogera ngʼabasalira omusango, kubanga nabategeeza dda nti, Mulina ekifo mu mitima gyaffe, nga tubeera balamu ffenna era nga tufiira wamu nammwe. Mbeesiga nnyo, era mbeenyumiririzamu nnyo; muŋŋumizza nnyo omwoyo ne mundeetera essanyu lingi wakati mu kubonaabona kwange.

Bwe twatuuka mu Makedoniya tetwasobola kuwummulako, nga twetooloddwa ebibonoobono ebya buli ngeri, ebweru nga waliyo entalo ate munda mu ffe nga tutidde. Naye Katonda agumya abo ababa batendewereddwa, nʼatuzzaamu amaanyi olwʼokutuuka kwa Tito.

Kubanga okunakuwala okwʼokwenenya eri Katonda kuleeta obulokozi, era tekuleeta kwejjusa; naye okunakuwala okwʼensi kuleeta kufa. Kubanga laba okunakuwala okwo Katonda kwʼasiima kwabaleetera okwewala bino: okufuba ennyo, nʼokwennyonnyolako, nʼokusunguwala, nʼokutya, nʼokwegomba, nʼokufuba ennyo okwenenya, nʼokuwalana eggwanga. Mwakola kyonna kye musobola okulongoosa ekyasoba.

Mu kugezesebwa okwʼokubonaabona, baagattika essanyu lyabwe eryʼekitalo nʼobwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo.

Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga nʼebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yasaasaanya, yagabira abaavu. Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.” Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate nʼamuwa nʼemmere eyʼokulya, anaayazanga ensigo yammwe era nʼagyongerako, era anaayongeranga ebibala ebyʼobutuukirivu. Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.

Bagamba nti Baweereza ba Kristo? Nga njogera ngʼagudde eddalu, nze mbasinga; Mbasinga okukola ennyo, era nsibiddwa mu kkomera emirundi mingi okubasinga, nʼemirundi gye nkubiddwa mingi okusingawo, era emirundi mingi ne mba kumpi nʼokufa. Abayudaaya bankuba embooko amakumi asatu mu mwenda ku mirundi egyʼenjawulo etaano. Nakubwa emiggo emirundi esatu. Omulundi gumu nakubwa amayinja. Emirundi esatu ekyombo kye nalingamu kyamenyeka. Olulala ne nsula era ne nsiiba mu buziba. Ntambudde nnyo, era emirundi mingi ne mpona akabi kʼomujjuzo gwʼemigga, ne mpona nʼakabi akʼabanyazi, nʼempona abʼeggwanga lyange, era nʼAbamawanga abalala. Nayolekera obubenje obwʼomu kibuga, ne mpona nʼokufiira mu ddungu ne mu muyaga ogwʼoku nnyanja, ne mpona nʼakabi akʼabantu abeeyita abooluganda; mu kukola ennyo ne mu kufuba nga seebaka, mu kulumwa enjala ne mu kufuuyibwa empewo ne mu kubeera obwereere. Ebirala bye simenye nga nabyo bikyali awo, neeraliikirira buli lunaku nga ndowooza ku Kkanisa zonna nga bwe ziri. Bwe wabaawo anafuye, nange nzigwamu amaanyi, omulala bwʼagwa mu kibi, nange njaka munda yange. Naye obanga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, ka neenyumirize olwʼebyo ebiraga obunafu bwange!

Ku bwʼomuntu oyo nzija kwenyumiriza naye ku bwange siryenyumiriza, okuggyako mu bunafu bwange.

okusingira ddala okubikkulirwa kwe nafuna. Noolwekyo olwʼobutagulumizibwa nnyo, kyenava nfumitibwa eriggwa mu mubiri, ye mubaka wa Setaani, ankube nneme okugulumizibwa ennyo. Emirundi esatu egyʼenjawulo nga nsaba Mukama amponye eriggwa eryo. Buli mulundi ngʼaŋŋamba nti, “Ekisa kyange kikumala, kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” Noolwekyo kyennaavanga nneegulumiza nʼessanyu lingi olwʼobunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke galabisibwe. Kyenva nsanyukira mu bunafu, mu kuvumibwa, mu bizibu, mu kuyigganyizibwa, mu binzitoowerera, ku lwa Kristo, kubanga buli bwe mba omunafu, olwo nga ndi wa maanyi.

Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ngʼekisuubizo kyʼabasika bwe kiri.

Naye ebibala ebyʼOmwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa,

Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo.

Katonda yatuzuukiriza wamu ne Kristo okuva mu kufa ne tufuna obulamu, era atutuuzizza mu bifo ebyʼomu ggulu, okumpi ne Kristo Yesu.

Nze Pawulo, Kristo Yesu yanfuula omusibe we, nsobole okuyamba mmwe Abaamawanga.

Ngʼomusibe wa Mukama waffe, mbakuutira mubeere nʼempisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa okutambuliramu. Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala.

Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, nʼabʼobuyinza, nʼamaanyi agʼensi agʼekizikiza, nʼemyoyo emibi egyʼomu bifo ebya waggulu. Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olwʼakabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu.

nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda. Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe ebyʼokwogera, era mbyogerenga nʼobuvumu nga ntegeeza abantu ekyama kyʼEnjiri. Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu nʼobuvumu nga bwe kinsaanira.

Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde. Naye obanga bwe mba omulamu mu mubiri ngʼekyo kibala kyʼokufuba kwange, simanyi kye nnaalondawo. Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi.

Kubanga mwaweebwa omukisa, ku lwa Kristo, si mu kumukkiriza kyokka, naye nʼokubonaabona ku lulwe.

Ddala yalwala era yali kumpi nʼokufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku nʼeteenneeyongera.

Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ngʼOmwoyo bwʼatuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.

Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi gʼokuzuukira kwe,

Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. Kale bwʼalijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ngʼogugwe ogwʼekitiibwa, ngʼakozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.

Musanyukirenga mu Mukama waffe bulijjo. Nziramu okubagamba nti Musanyukenga. Era mubeere nʼokuzibiikiriza eri abantu bonna. Mukama waffe, ali kumpi. Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu nʼokwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. Nʼemirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe nʼemitima gyammwe mu Kristo Yesu.

Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba nʼebingi ne mu bwetaavu. Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi. Kyokka mukola bulungi okulumirirwa awamu nange mu kubonaabona kwange.

Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ngʼobugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.

Amaanyi agʼekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke, nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu abʼobwakabaka obwʼekitangaala. Katonda eyatuwonya nʼatuggya mu maanyi gʼekizikiza aga Setaani, nʼatutwala mu bwakabaka bwʼOmwana we omwagalwa,

Kaakano nsanyuka olwʼokubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lwʼomubiri gwe, ye Kkanisa.

Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gyʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, kubanga mwafa era nʼobulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. Kristo atuwa obulamu, bwʼalirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

Nʼemirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.

Mumanyi nga bwe twabonaabonera e Firipi, nʼokuyisibwa obubi kyokka ne tugumira mu Katonda waffe ne tubategeeza Enjiri ya Katonda nga tuli mu kuwakanyizibwa okungi.

waleme okubaawo nʼomu aterebuka olwʼokuyigganyizibwa kwe mwalimu. Mmwe mwennyini mumanyi nti ekyo kye twayitirwa. Kubanga ne bwe twali tukyali nammwe twabategeeza nti Tuli baakuyigganyizibwa era bwe kyali bwe kityo era mukimanyi. Ssaayinza kwongera kugumiikiriza kyennava ntuma Timoseewo ajje alabe obanga okukkiriza kwammwe kukyali kunywevu, si kulwa nga mukemebwa omukemi, ne tuba nga twateganira bwereere.

Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera ebyʼabo abafu, ne munakuwala ngʼabalala abatalina ssuubi. Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era nʼazuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu. Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa.

Musanyukenga ennaku zonna. Musabenga obutayosa. Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda kyʼabaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu.

Katonda owʼemirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, nʼemmeeme yammwe nʼomubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olwʼokujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.

ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olwʼokugumiikiriza kwammwe nʼokukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu nʼokubonaabona bye mugumiikiriza. Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera, ate ngʼabo ababanyigiriza alibabonereza nga bwe kibagwanidde. Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bwʼaliva mu ggulu, ne bamalayika be abʼamaanyi,

Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe eyatwagala nʼatuwa essanyu nʼessuubi eddungi olwʼekisa kye, abazzeemu amaanyi, era abanywezenga mu buli kye mukola ne mu buli kigambo ekirungi.

Kale Mukama nannyini mirembe abawenga emirembe mu byonna. Mukama abeerenga nammwe mwenna.

Lekeraawo okunywanga amazzi gokka, naye nywanga ne ku wayini mutono olwʼolubuto lwo, nʼolwʼokulwalalwala kwo.

Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu. Naye bwe tuba nʼemmere, nʼebyokwambala ebyo bitumalenga.

Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, nʼokwagala era nʼokwegendereza.

Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olwʼEnjiri ngʼoyambibwa amaanyi ga Katonda, eyatulokola nʼatuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ngʼasinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ngʼebikolwa byaffe bwe biri, naye olwʼekigendererwa kye ye, nʼekisa kye, kye yatukwatirwa ngʼayita mu Kristo Yesu okuva edda nʼedda Lyonna. Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kwʼOmulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, nʼaleeta obulamu obutazikirizibwa ngʼayita mu Njiri, gye nalonderwa okugisaasaanya, nʼokuba omutume, era omuyigiriza, era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti Ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.

OlwʼEnjiri eyo, kyenva mbonaabona nʼensibibwa ngʼomukozi wʼebibi. Naye ekigambo kya Katonda kyo tekisibiddwa. Kyenva ngumira ebintu byonna olwʼabalonde nabo balyoke balokolebwe era bafune, nʼekitiibwa ekitaggwaawo ekiri mu Kristo Yesu. Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti: “Obanga twafiira wamu naye, era tulibeera balamu wamu naye. Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Obanga tumwegaana era naye alitwegaana.

Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, nʼempisa zange, ne kye nduubirira, nʼokukkiriza kwange nʼokubonaabona kwange nʼokwagala kwange, nʼokugumiikiriza kwange, nʼokuyigganyizibwa nʼokubonyaabonyezebwa ebyantukako mu Antiyokiya, ne mu Ikoniya ne mu Lisitula, okuyigganyizibwa kwe nayigganyizibwa, kyokka Mukama nʼamponya mu byonna. Era bonna abaagala okuba mu bulamu obutya Katonda mu Kristo Yesu, banaayigganyizibwanga.

Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ngʼokola omulimu ogwʼomubuulizi wʼenjiri, ngʼotuukiririza ddala obuweereza bwo.

Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange ekyʼokuva ku nsi kituuse. Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange. Kye nsigazza kwe kufuna engule eyʼobutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gyʼalimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa nʼabo bonna abeegomba okujja kwe.

Mu kuwoza kwange okwasooka, tewaali nʼomu yajja kubeera nange, bonna banjabulira. Nsaba Katonda ekyo kireme kubavunaanibwa. Kyokka Mukama waffe yabeera nange, nʼampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bwʼatyo nʼanziggya mu kamwa kʼempologoma. Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe nʼemirembe. Amiina.

ebyesigamye ku kusuubira okwʼobulamu obutaggwaawo, Katonda owʼamazima kwe yasuubiza ngʼebiro ebyʼemirembe nʼemirembe tebinnabaawo,

Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu, nʼowooluganda Timoseewo, tuwandiikira ggwe Firemooni, mukozi munnaffe omwagalwa,

naye okwagala kwange gyʼoli kumpaliriza okukusaba obusabi, nze, Pawulo, kaakano akaddiye, era ali mu kkomera olwa Kristo Yesu;

Olwʼokubanga abaana balina omubiri nʼomusaayi, naye yalina omubiri nʼomusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi agʼokufa, ye Setaani. Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olwʼentiisa yʼokufa.

Yabonaabona, ye yennyini ngʼakemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.

Noolwekyo ngʼekisuubizo ekyʼokuyingira mu kiwummulo kye, bwe kikyaliwo, twerinde, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu. Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa. Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti, “Nasunguwala ne ndayira nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ” Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kwʼensi. Kubanga waliwo wʼayogerera nti, “Katonda bwe yamala okukola emirimu gye gyonna nʼawummulira ku lunaku olwʼomusanvu.” Ayongera nʼagamba nti, “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.” Kyaterekerwa abamu okuyingiramu, ate ngʼabo abaasooka okubuulirwa Enjiri, tebaayingira olwʼobujeemu. Katonda kyeyava ateekateeka nate olunaku, nʼalutuuma leero, bwe yayogerera mu Dawudi, oluvannyuma lwʼekiseera ekiwanvu nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe. Kubanga singa Yoswa yabatwala mu kifo ekyʼokuwummula, Katonda teyandiyogedde ku lunaku olulala olwʼokuwummula.” Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka.

Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka nʼatakola kibi kyonna. Kale tusembererenga entebe ya Katonda eyʼobwakabaka eyʼekisa nʼobuvumu, tufune okusaasirwa nʼekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.

Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogwʼobuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bwʼakaaba amaziga mu ddoboozi eryʼomwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda nʼawulira okusaba kwe. Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona.

Mujjukire ennaku ezʼedda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okwʼamaanyi. Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu nʼabo abaabonaabona nga mmwe. Mwalumirwa wamu nʼabasibe, era mwagumiikiriza nʼessanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti Mulina ebisinga obulungi era ebyʼolubeerera ebibalindiridde. Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene. Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda byʼayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza. Wasigadde akaseera katono nnyo, oyo owʼokujja ajje era talirwa. Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza, kyokka bwʼadda emabega simusanyukira.

Bwe kityo bangi ne bava mu muntu omu eyali omukadde ennyo ne baba bangi nnyo ngʼemmunyeenye ezʼoku ggulu, era ngʼomusenyu oguli ku nnyanja ogutabalika.

Abo bonna baafiira mu kukkiriza. Baafa nga Katonda bye yabasuubiza tebannabifuna, naye nga basanyufu nga bamanyi nti Bibalindiridde, kubanga baategeera nti Ku nsi kuno baali bagenyi bugenyi abatambuze.

Olwʼokukkiriza Musa ngʼakuze, yagaana okuyitibwa omwana wʼomumbejja wa Falaawo nʼalondawo okubonaabonera awamu nʼabantu ba Katonda nʼagaana okuba mu ssanyu eryʼekibi eriggwaawo amangu. Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bwʼe Misiri, kubanga yali asuubira empeera. Olwʼokukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ngʼalaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso agʼomubiri.

Njogere ki nate? Nʼekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidyoni, ne ku Baraki, ne Samusooni, ne Yefusa, ne Dawudi, ne Samwiri ne bannabbi abalala, abaawangula bakabaka olwʼokukkiriza, be baakola ebyʼobutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, era be baabuniza obumwa bwʼempologoma, be baazikiza omuliro ogwʼamaanyi, be baawona obwogi bwʼekitala. Be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, era be baafuuka abazira abʼamaanyi mu ntalo, ne bagoba amaggye gʼamawanga. Abakazi baddizibwa abantu baabwe abaali bafudde ne bazuukira. Abalala baabonyaabonyezebwa okutuusa okufa, nga tebalokolebbwa, balyoke bafune obulamu obusingako nga bazuukidde. Nʼabalala ne basekererwa ne bakubibwa embooko nga bagezesebwa, nʼabalala ne basibwa ne bateekebwa ne mu makomera. Baakubibwa amayinja, baasalibwamu nʼemisumeeno, ne battibwa nʼekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba gʼendiga nʼagʼembuzi nga kumpi tebalina kantu, nga bali mu kwetaaga, ne banyigirizibwa, ne bayisibwa bubi, nʼensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi nga beekweka mu mpuku ne mu mpampagama zʼenjazi. Naye abantu bano bonna abajjula okukkiriza tebaafuna kyasuubizibwa. Kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.

Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene ekyʼabajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu nʼekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga nʼokugumiikiriza embiro ezʼempaka ezatutegekerwa, nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era yʼakutuukiriza, olwʼessanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ngʼanyooma ensonyi, nʼatuula ku luuyi olwa ddyo olwʼentebe ya Katonda. Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okwʼabakozi bʼebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima.

Temunnalwanagana na kibi okutuusa ne kukuyiwa omusaayi! Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ngʼabaana be? Agamba nti, “Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama, so toggwangamu maanyi ngʼakunenyezza. Kubanga Mukama gwʼayagala amukangavvula, Era abonereza buli gwʼayita omwana we.” Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ngʼabaana be. Mwana ki kitaawe gwʼatakangavvula? Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala. Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe abʼomubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe wʼemyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu? Bakitaffe abʼomubiri baatugunjulira ennaku si nnyingi, naye ye atugunjula tugasibwe tulyoke tusobole okugabanira awamu naye mu butukuvu bwe. Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala ebyʼemirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu.

Bwe mutyo munyweze emikono gyammwe egikooye nʼamaviivi gammwe agajugumira, era ebigere byammwe mubikolere ekkubo eggolokofu, abo ababagoberera newaakubadde nga balema era banafu, baleme okuva mu kkubo eryo, wabula bawonyezebwe.

Mujjukirenga abasibe abali mu kkomera, nga muli nga abaasibirwa awamu nʼabo. Munakuwaliranga wamu nabo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe muli mu mubiri.

Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti, “Sirikuleka era sirikwabulira nʼakatono.” Kyetuva twogera nʼobuvumu nti, “Mukama ye mubeezi wange, siityenga, omuntu ayinza ku nkola ki?”

Noolwekyo ne Yesu kyeyava abonaabonera era nʼafiira ebweru wʼekibuga alyoke atutukuze nʼomusaayi gwe ye. Kale naffe tufulume tulage gyʼali ebweru wʼolusiisira nga twetisse ekivume kye. Kubanga wano ku nsi tetulinaawo kibuga kya lubeerera, wabula tulindirira ekyo ekijja.

Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka eyʼokutendereza Katonda, kye kirabo ekyʼemimwa, nga twatula erinnya lye. Temwerabiranga kukola bulungi nʼokugabananga; kubanga ssaddaaka eziri ngʼezo Katonda zimusanyusa.

Baganda bange, mulowoozenga byonna okuba essanyu, bwe mukemebwanga mu ngeri ezitali zimu nga mumanyi ngʼokugezesebwa kwʼokukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. Omulimu gwʼokugumiikiriza bwe gutuukirira, ne mulyoka mufuuka abatuukiridde era abakulidde ddala mu mwoyo, nga temulina kibabulako.

Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bwʼalimala okusiimibwa aliweebwa engule eyʼobulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.

Ekyokulabirako ekyʼokugumiikiriza nʼokubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama, era obulamu bwe butulaga ngʼentegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.

Waliwo mu mmwe ali mu buzibu? Kirungi asabenga olwʼobuzibu obwo. Nʼabo abeetaaga okwebaza, kirungi bayimbirenga Mukama bulijjo ennyimba ezʼokumutendereza. Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze bʼEkkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo nʼokukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba nʼomutima omumalirivu ogwʼomuntu omutuukirivu, kubeera nʼobuyinza bungi, era nʼebivaamu biba bya ttendo.

Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera. Kubanga okugezesebwa kwʼokukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro nʼekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo nʼekitiibwa nʼokugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lwʼalirabikirako.

Kubanga kya mukisa omuntu bwʼabonyaabonyezebwa awatali nsonga, nʼagumiikiriza olwʼokutuukiriza ekyo Katonda kyʼayagala. Kale kitiibwa ki kye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonaabona olwʼokukola ekibi? Naye Katonda abasiima bwe mugumiikiriza nga mubonyaabonyezebwa olwʼokukola obulungi. Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, nʼabalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera. “Kristo teyakola kibi wadde okwogera ebyobukuusa.” Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza. Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olwʼebiwundu bye, mwawonyezebwa.

Naye era ne bwe munaabonyaabonyezebwanga olwʼobutuukirivu, mulina omukisa. “Temutya bye batya; temutekemuka.”

Okubonyaabonyezebwanga olwʼokukola obulungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, kusinga okubonyaabonyezebwa olwʼokukola ekibi. Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olwʼebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lwʼabatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka nʼabeera mulamu mu mwoyo.

Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mumalirire okubonaabona nga ye. Kubanga abonaabona mu mubiri aba takyafugibwa kibi.

Abaagalwa, temwewuunya obulumi obwʼamaanyi bwe bubatuukako ngʼabatuukiddwako ekintu ekitali kya bulijjo. Kyokka musanyuke kubanga mugabanye ku kubonaabona kwa Kristo, mulyoke mujjule essanyu, ngʼekitiibwa kye kirabise. Mulina omukisa bwe muvumibwa olwʼerinnya lya Kristo kubanga Omwoyo owʼekitiibwa owa Katonda ali ku mmwe. Mu mmwe temusaana kubaamu mutemu, oba mubbi, oba omukozi wʼebibi, wadde eyeeyingiza mu byʼabalala. Kubanga buli abonyaabonyezebwa olwʼebyo taliiko kyʼagasibwa. Naye bwʼabonyaabonyezebwa olwʼokuba Omukristaayo aleme kukwatibwa nsonyi, wabula yeebazenga Katonda olwʼokuba owa Kristo.

Noolwekyo abo ababonaabona olwʼokutuukiriza ekyo Katonda kyʼayagala, basaanidde okuwaayo obulamu bwabwe eri Katonda waabwe omwesigwa, bakole obulungi.

Noolwekyo mbulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe, omujulirwa wʼokubonaabona kwa Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulirwa.

Noolwekyo mwewombeeke wansi wʼomukono gwa Katonda ogwʼamaanyi, naye alibagulumiza ngʼobudde butuuse. Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako. Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ngʼempologoma enjala gyʼeruma egenda ngʼewuluguma ngʼenoonya gwʼeneerya. Mumwaŋŋange ngʼabalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti Ebibonoobono ebiri ngʼebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna. Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ngʼayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza.

Kubanga mu maanyi gʼobwakatonda bwe, mwetwaweerwa ebintu byonna olwʼobulamu buno nʼokutya Katonda mu kumanya oyo eyatuyita olwʼekitiibwa kye nʼobulungi bwe ye.

Mukama amanyi okuwonya nʼokuggya mu kugezesebwa abamutya, nʼabonereza abatali bakkiriza okutuusa ku lunaku olwʼokusalirako omusango,

Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ngʼolunaku olumu, era nʼolunaku olumu luli ngʼemyaka olukumi. Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ngʼabamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.

Mmwe, abaana abaagalwa, muli ba Katonda era mumaze okuwangula, kubanga oyo ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi.

Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kwʼalina gye tuli. Katonda kwagala, era buli abeera nʼokwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. Bwe twagala bannaffe nga Kristo bwe yakola ngʼali mu nsi muno, tetulibaako kye tweraliikirira ku lunaku olwʼokusalirako omusango. Mu kwagala temuliimu kutya, kubanga okwagala okutuukiridde kumalawo okutya; kubanga okutya kulimu okubonerezebwa, na buli atya, aba tannatuukirira mu kwagala.

kubanga buli mwana wa Katonda awangula ekibi nʼokwegomba ensi, era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe. Naye ani ayinza okuwangula ensi okuggyako oyo akkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda?

Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gyʼali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bwʼasiima atuwulira. Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.

Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bwʼoli mu mwoyo.

era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo ebyʼokufa nʼamagombe.

Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogwʼobulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.”

“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Sumuna wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma nʼazuukira nʼaba mulamu, nti Mmanyi okubonaabona kwo nʼobwavu bwo, naye ngʼoli mugagga, era nʼokulimirira kwʼabo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. Temutya nʼakatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule eyʼobulamu.

Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.”

Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”

Oyo aliwangula era nʼoyo alisigala ngʼakola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga. ‘Alibafuga nʼomuggo ogwʼekyuma, nʼabayasaayasa ngʼayasaayasa ebibya ebyʼebbumba.’ Era ndimuwa emmunyeenye eyʼenkya nga nange bwe nagiweebwa Kitange. Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”

Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo kyʼobulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti Oyo muntu wange. Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”

Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, mwʼataliva emirembe gyonna, era ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, nʼerinnya lyʼekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva mu ggulu eri Katonda wange nʼerinnya lyange eriggya. Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”

Buli awangula ndimukkiriza okutuula ngʼanninaanye, ku ntebe yange eyʼobwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye. Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”

Ne nziramu nti. “Mukama wange, gwʼomanyi.” Nʼaŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gwʼOmwana gwʼEndiga. Kyebavudde babeera wano mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka eya Katonda nga bamusinza emisana nʼekiro mu Yeekaalu ye. Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, anaaberanga nabo ngʼabalabirira. Tebaliddayo kulumwa njala wadde ennyonta, newaakubadde omusana okubookya wadde ekyokya ekirala kyonna; kubanga Omwana gwʼEndiga ayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka, yʼanaabeeranga omusumba waabwe era yʼanaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ezʼamazzi agʼobulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”

Ne bamuwangula olwʼomusaayi gwʼOmwana gwʼEndiga, nʼolwʼekigambo ekyʼobujulirwa bwabwe, ne bawaayo obulamu bwabwe nga tebatya na kufa.

Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa.” Awo ne mpulira eddoboozi nga liva mu ggulu nga ligamba nti, “Wandiika kino nti Okuva kaakano, balina omukisa abafu, abafiira mu Mukama waffe. Balina omukisa ddala,” bwʼayogera Omwoyo. Banaawummula okutegana kwabwe, kubanga ebikolwa byabwe bibagoberera.

Era mu Babulooni mwasangibwamu omusaayi gwʼabatukuvu nʼogwa bannabbi, nʼabo bonna abattibwa ku nsi.”

Awo ne ndaba entebe ezʼobwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gyʼabo abaatemebwako emitwe olwʼokunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi.

Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.” Oyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka nʼagamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era nʼaŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!” Nʼaŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ezʼamazzi amalamu, agʼobuwa. Buli awangula alifuna ebyo byonna ngʼomugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net