30 – Okukungaana Mu Mpewo

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Okukungaana Mu Mpewo.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

“Amangu ddala ngʼokubonyaabonyezebwa kwʼomu nnaku ezo kuwedde, ‘enjuba eriggyako ekizikiza era nʼomwezi teguliyaka, nʼemmunyeenye zirigwa nʼamaanyi gʼeggulu galinyeenyezebwa.’ ” “Oluvannyuma lwʼebyo akabonero kʼOmwana wʼomuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kwʼamawanga gonna agʼomu nsi, era baliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajja ku bire byʼeggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene. Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi eryʼomwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olwʼeggulu okutuuka ku ludda olulala.”

Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu nʼeddoboozi eryʼomwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, nʼekkondeere lya Katonda, nʼabo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.

Kaakano abooluganda, ku byʼokukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era nʼokukuŋŋaanyizibwa okumusisinkana, tubasaba muleme okweraliikirira wadde emitima okubeewanika newaakubadde olwʼomwoyo, newaakubadde olwʼekigambo wadde olwʼebbaluwa, ebirabika ngʼebivudde gye tuli, nga biranga nti olunaku lwa Mukama lutuuse. Omuntu yenna tabalimbalimbanga mu ngeri yonna; kubanga okuggyako ngʼobujeemu busoose okujja, nʼomuntu oli owʼobujeemu, omwana wʼokuzikirira ngʼamaze okulabisibwa, oyo alivvoola Katonda ne yeegulumiza okusinga ebintu byonna nga yeeyita katonda oba ekissibwamu ekitiibwa atuule mu yeekaalu ya Katonda omwo nga yeefuula okuba Katonda.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 216 ebitundu

Nteeka obulabe wakati wo nʼomukazi, ne wakati wʼezzadde lyo nʼezzadde lyʼomukazi; ezzadde lye linaakubetentanga omutwe, naawe onoolibojjanga ekisinziiro.

Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu, era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi. Era ngʼolususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda; nze mwene ndimulaba, nʼamaaso gange, Nze, so si mulala. Emmeeme yange ngʼeyaayaana munda mu nze!

Olulituuka mu nnaku ezʼoluvannyuma olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira, luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna, era amawanga gonna galilwolekera. Abantu bangi balijja bagambe nti, Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama, mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo, alyoke atuyigirize amakubo ge, tulyoke tutambulire mu mateeka ge. Kubanga Mukama aliteeka amateeka ngʼasinziira mu Sayuuni, era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye. Alisala enkaayana zʼamawanga, aliramula emisango gyʼabantu bangi, era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi, nʼamafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.

Mugende mwekweke mu njazi, mwekweke mu binnya wansi mu ttaka, nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda, nga mudduka entiisa yʼekitiibwa kyʼobukulu bwe. Olunaku lujja okweyisa kwʼomuntu nʼamalala ge lwe birizikirizibwa, era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo. Kubanga Mukama Katonda owʼEggye alina olunaku lwʼategese eri abo bonna abʼamalala era abeewanise, eri ebyo byonna ebyʼegulumiza ebijjudde okwemanya nʼokwewulira. Alizikiriza emiti gyʼomu Lebanooni, emiwanvu emigulumivu, nʼemivule gyonna egya Basani. Era nʼensozi zonna empanvu, nʼobusozi bwonna obugulumivu. Na buli mulongooti gwonna omuwanvu, na buli bbugwe gwe bakomese. Alizikiriza emmeeri zonna ezʼe Talusiisi, nʼebifaananyi byonna ebisiige ebyʼomuwendo omungi. Era okwegulumiza kwʼabantu kulijemulukuka, nʼamalala gʼabantu galissibwa; era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo. Nʼebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo. Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja, ne mu binnya mu ttaka, nga badduka entiisa nʼekitiibwa kyʼobukulu bwa Mukama Katonda, bwaliyimuka okukankanya ensi nʼamaanyi. Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, nʼabakole mu zaabu, be beekolera nga ba kusinzanga, ne babakanyuga eri emmese nʼeri ebinyira. Balidduka ne beekukuma mu mpuku ezʼamayinja amaatifu nga badduka entiisa nʼekitiibwa kyʼobukulu bwa Mukama Katonda, bwaliyimuka okukankanya ensi.

Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bwʼabakazi ba Sayuuni, era nʼomwoyo ogusala ensonga nʼomwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo gʼomusaayi mu Yerusaalemi. Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obwʼemisana, nʼomukka nʼokumasaamasa ngʼomuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna ekyʼolusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda.

Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, nʼokufuga kunaabanga ku bibegabega bye. Nʼerinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi wʼamagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe owʼEmirembe Gyonna, Omulangira wʼEmirembe. Okufuga kwe nʼemirembe biryeyongeranga obutakoma. Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe, nʼokubuwanirira nʼobwenkanya nʼobutuukirivu okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Obumalirivu bwa Mukama Katonda owʼEggye bulikituukiriza ekyo.

Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi, lulijja ngʼokuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba! Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi, na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka; era bakeŋŋentererwe nʼokubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ngʼomukazi alumwa okuzaala. Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira. Laba olunaku lwa Mukama lujja, olunaku olubi ennyo olwʼekiruyi nʼobusungu obubuubuuka okufuula ensi amatongo, nʼokuzikiriza abakozi bʼebibi okubamalamu. Kubanga emmunyeenye ezʼomu ggulu nʼebibiina byazo tebiryaka; enjuba nayo teryaka nga bwʼekola bulijjo, nʼomwezi nagwo tegulyaka. Ndibonereza ensi olwʼokwonoona kwʼayo, nʼabakozi bʼebibi olwʼebyonoono byabwe. Era ndimalawo okweyisa kwʼabʼamalala era nzikakkanya okwenyumiriza kwʼabo abakambwe. Abantu ndibafuula abebbula okusinga zaabu ennongoose eya ofiri. Noolwekyo ndikankanya eggulu, era nʼensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo, olwʼobusungu bwa Mukama Katonda owʼEggye, ku lunaku lwʼobusungu bwe obungi.

era alimalirawo ddala okufa. Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna, era aliggyawo okuswazibwa kwʼabantu be mu nsi yonna. Mukama ayogedde.

Mukama anyiigidde amawanga gonna, ekiruyi kye kiri ku magye gaabwe gonna. Alibazikiririza ddala, alibawaayo okuttibwa. Abantu baabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, nʼemirambo gyabwe giriwunya, nʼensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe. Emmunyeenye zonna ezʼomu ggulu zirisaanuuka, nʼeggulu liryezingako ngʼomuzingo; nʼeggye eryʼomu ggulu lirigwa, ngʼebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu, ngʼebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini. Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu, era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango, abantu be mmaliddewo ddala. Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi, kiriko amasavu, omusaayi gwʼabaana bʼendiga nʼembuzi, amasavu agava mu nsingo za sseddume. Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula, era waliyo nʼokuttibwa okwʼamaanyi mu Edomu. Embogo zirifiira wamu nazo, nʼobute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo. Ensi yaabwe erijjula omusaayi, nʼenfuufu erinnyikira amasavu. Mukama alina olunaku olwʼokuwalanirako eggwanga, omwaka ogwʼokwesasuza, olwʼensonga eya Sayuuni. Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo, nʼenfuufu ye erifuuka ngʼobuwunga bwa salufa ayokya. Ensi ye erifuuka ngʼobulimbo obuggya omuliro. Talizikizibwa emisana nʼekiro, nʼomukka gwe gulinyooka ennaku zonna. Edomu alisigala kifulukwa emirembe nʼemirembe, era tewaliba nʼomu ayita mu nsi eyo.

“Mudde gye ndi, mulokoke, mmwe mwenna abali ku nkomerero zʼensi, kubanga nze Katonda so tewali mulala. Neerayiridde, ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima so tekiriggibwawo mu maaso gange. Buli vviivi lirifukamira, na buli lulimi lulirayira!

alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo. Okuva ku mirembe egyʼedda ennyo, nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo era ndituukiriza byonna bye nategeka.’

Wuliriza! Amaloboozi gʼabakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa. Bonna awamu bajaguza olwʼessanyu. Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba nʼamaaso gaabwe.

“Laba nditonda eggulu eriggya nʼensi empya. Ebintu ebyʼedda tebijja kujjukirwa wadde okulowoozebwako mu mutima.

“Kubanga nga eggulu eppya nʼensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olwʼamaanyi gange, bwʼayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe nʼerinnya lyammwe bwe birisigala.

Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo! Tewali lulirufaanana. Kiriba kiseera kyʼakabi eri Yakobo, naye aliwona nʼakiyitamu.”

“ ‘Era bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndinoonya endiga zange ne nzirabirira. Ngʼomusumba bwʼalabirira ekisibo kye ngʼezimu ku ndiga zisaasaanye okumuvaako, bwe ntyo bwe ndizirabirira. Ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olwʼebire olwʼekizikiza. Ndiziggya mu mawanga ne nzikuŋŋaanya mu nsi gye zaasaasaanira ne nzikomyawo mu nsi yaazo. Ndiziriisiza ku nsozi za Isirayiri okumpi ne nzizi ne mu bifo byonna ebibeerwamu mu nsi.

Kyonoova owa obunnabbi gye bali nʼoyogera nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Mmwe abantu bange, ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza, era ndibakomyawo mu nsi ya Isirayiri. Kale mulimanya nga nze Mukama, era nga nammwe muli bantu bange, bwe ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza.

Waliwo Katonda owʼomu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ezʼenkomerero. Ekirooto nʼokwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino.

“Watunula, ayi kabaka, era laba, mu maaso go nga wayimiriddewo ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo kyali kinene nnyo, nga kimasamasa nnyo nnyini era nga kya ntiisa. Omutwe gwakyo gwali gwa zaabu ennongoose, ekifuba kyakyo nʼemikono gyakyo nga bya ffeeza, nʼolubuto lwakyo nʼebisambi byakyo nga bya kikomo, nʼamagulu gaakyo nga ga kyuma. Nʼebigere byakyo ekitundu ekimu kyali kya kyuma, nʼekitundu ekirala nga kya bbumba. Awo bwe wali ngʼokyakitunuulira, olwazi ne lutemebwa, naye si na ngalo, ejjinja ne livaako ne likuba ekifaananyi ku bigere byakyo ebyʼekyuma nʼebbumba, ne libyasaayasa. Ekyuma nʼebbumba, nʼekikomo, ne zaabu, byonna ne biyasibwayasibwa wamu, ne bifuuka ngʼebisusunku ebyʼomu gguuliro mu biro ebyʼomusana omungi; kibuyaga nʼabifuuwa obutalekaawo na kimu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lujjula ensi yonna.

“Ekyo kye kyali ekirooto; kaakano tunaategeeza kabaka amakulu gaakyo. Ggwe, ayi kabaka, ggwe kabaka wa bakabaka, Katonda owʼeggulu gwe yawa obwakabaka, nʼobuyinza, nʼamaanyi, nʼekitiibwa; era akukwasizza abantu nʼensolo ezʼomu nsiko, nʼennyonyi ezʼomu bbanga. Buli we bibeera, akuwadde okubifuga, era ggwe mutwe ogwa zaabu. “Bwʼolivaawo, obwakabaka obulala buliddawo, obutenkanankana bubwo. Nʼoluvannyuma waliddawo obwakabaka obwokusatu nga bwa kikomo obulifuga ensi yonna.

Oluvannyuma lwʼebyo byonna waliddawo obwakabaka obwokuna obuliba obwʼamaanyi ngʼekyuma; era ngʼekyuma ekimenyaamenya ne kibetentabetenta buli kintu, era ngʼekyuma bwe kimenyaamenya obutundutundu, bwe kityo bwe kiribetentabetenta ne kimenyaamenya obwakabaka obulala bwonna. Nga bwe walaba ebigere nʼobugere ekitundu nga kya bbumba eryʼomubumbi, nʼekitundu nga kya kyuma, bwe butyo obwakabaka bwe buligabanyizibwamu; ate nga bulisigala nʼamaanyi agʼekyuma, nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba. Ngʼobugere bwe bwali, ekitundu nga kya kyuma nʼekitundu ekirala nga kya bbumba, nʼobwakabaka buno buliba bwe butyo, ekitundu ekimu nga kyʼamaanyi nʼekitundu ekirala nga kinafu. Era nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba bwe batyo nʼabantu bwe baliba so tebalisigala bumu, ngʼekyuma bwe kitasobola kwetabula bulungi na bbumba.

“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda wʼeggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna. Gano ge makulu agʼokwolesebwa okukwata ku jjinja eryatemebwa mu lusozi, eritatemebwa na ngalo za muntu; eryabetentabetenta ekyuma, nʼekikomo, nʼebbumba, ne ffeeza, ne zaabu. “Katonda omukulu abikkulidde kabaka ebigenda okubaawo mu biro ebyʼomu maaso. Ekirooto kituufu nʼamakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.”

Danyeri nʼayogera nti, “Mu kwolesebwa kwange ekiro, nalaba empewo ezʼomu ggulu nnya nga zisiikuula ennyanja ennene, nʼensolo enkambwe nnya ezʼebika ebyʼenjawulo ne ziva mu nnyanja. “Eyasooka yali mpologoma ngʼerina ebiwaawaatiro ebyʼempungu. Awo bwe nnali nga nkyagitunuulira, ebiwaawaatiro byayo ne bigikuunyuukako, nʼesitulibwa, nʼeyimirira ku magulu abiri ngʼomuntu, nʼeweebwa omutima ogwʼomuntu. “Ate ne ndaba ensolo enkambwe eyookubiri, eyali ngʼeddubu. Nʼesitulibwa ku luuyi olumu era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo, nʼeragirwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’ “Oluvannyuma ne ndaba ensolo enkambwe endala eyali ngʼengo, ngʼerina ebiwaawaatiro bina ebyʼennyonyi, ngʼerina nʼemitwe ena, nʼeweebwa nʼobuyinza okufuga. “Nʼoluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo enkambwe eyokuna, nga ya ntiisa, nga ya buyinza era nga ya maanyi mangi nnyo. Yalina amannyo amanene agʼekyuma, nʼerya nʼebetenta, nʼerinnyirira ebyasigalawo. Yali yanjawulo ku nsolo enkambwe endala, ngʼerina nʼamayembe kkumi. “Awo bwe nnali nga nkyalowooza ku mayembe, ne walabika mu maaso gange ejjembe eddala, ettono, eryava mu ago; nʼamayembe asatu ku ago agʼolubereberye ne gasimbulirwa ddala. Ejjembe eryo lyalina amaaso ngʼagʼomuntu, nʼakamwa akaayogeranga ebyʼokwegulumiza.

“Era nga nkyali awo ne ndaba, entebe ezʼobwakabaka nga ziteekeddwawo, nʼOwedda nʼEdda nʼatuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka. Ebyambalo bye byali byeru ngʼomuzira, nʼenviiri ezʼoku mutwe gwe nga njeru ngʼebyoya byʼendiga. Entebe ye eyʼobwakabaka yali eyakaayakana ngʼennimi zʼomuliro, ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro. Omugga gwʼomuliro nga gukulukuta, nga gukulukutira awo mu maaso ge. Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga, nʼemitwalo nʼemitwalo baayimiriranga mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kutandika, ebitabo ne bibikkulwa.

“Awo ne neyongera okwetegereza ebigambo ebyʼokwegulumiza, ejjembe lye byayogeranga. Ne ntunula okutuusa ensolo enkambwe bwe yafumitibwa nʼettibwa, nʼesuulibwa mu muliro, nʼezikirizibwa. Ensolo enkambwe endala zo zaggibwako obuyinza bwazo, kyokka ennaku zaazo ne zongerwako.

“Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ngʼomwana wʼomuntu, ngʼajja nʼebire ebyʼomu ggulu. Nʼajja okumpi nʼOwedda nʼEdda, nʼasembezebwa mu maaso ge. Nʼaweebwa obuyinza, nʼekitiibwa, nʼobwakabaka nʼamaanyi agava waggulu; abantu bonna, nʼamawanga gonna, nʼabantu abʼennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, nʼobwakabaka bwe tebulizikirizibwa.

‘Ensolo enkambwe ezo ennya, be bakabaka abana abalisibuka mu nsi. Naye abatukuvu abʼOyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe nʼemirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’

“Awo ne njagala okumanya ensolo enkambwe eyokuna kyʼetegeeza, etaafaanana ngʼendala zonna, eyali eyʼentiisa ennyo, amannyo gaayo nga ga kyuma, nʼenjala zaayo nga za kikomo, eyabetenta, nʼemenyaamenya era nʼerinnyirira ezaasigalawo. Ate ne njagala nʼokumanya ku byʼamayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, ne ku byʼejjembe liri eddala eryasibuka wakati mu go, asatu ne galivuunamira, ejjembe eryo lye lyalina amaaso nʼakamwa akayogeranga ebyʼokwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga ganne gaalyo. Awo bwe nnali nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana nʼabatukuvu ne lyagala okubawangula, okutuusa owʼEdda nʼEdda bwe yajja nʼasala omusango, abatukuvu bʼOyo Ali Waggulu Ennyo ne bagusinga, era nʼekiseera ne kituuka ne baweebwa obwakabaka.

“Nʼannyinnyonnyola nti, ‘Ensolo enkambwe eyokuna bwe bwakabaka obwokuna obulirabika ku nsi, era tebulifaanana ngʼobwakabaka obulala; era bulirya ensi yonna, ne bugirinnyirira ne bugibetentabetenta. Amayembe ekkumi, be bakabaka ekkumi abaliva mu bwakabaka obwo, era walirabikawo nʼomulala oluvannyuma lwʼabo, atalifaanana ngʼaboolubereberye. Aliwangula bakabaka basatu. Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo nʼamateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu nʼekitundu. “ ‘Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, nʼobuyinza bwe ne bumuggyibwako, ne buzikiririzibwa ddala. Nʼoluvannyuma ekitiibwa, nʼobuyinza nʼobukulu obwʼobwakabaka obuli wansi wʼeggulu, buliweebwa abatukuvu bʼOyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, nʼamatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’

Mu ago ne muva ejjembe eddala ettono, ne likula mu maanyi mangi okwolekera obukiikaddyo, nʼebuvanjuba nʼeri ensi eyʼekitalo ennungi. Ne likula ne lituuka eri eggye eryʼomu ggulu, ne lisuula abamu ku bʼeggye ne mmunyeenye ezimu wansi ku nsi, ne libirinnyirira. Ne lyegulumiza okwenkanankana omukulu wʼeggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa, nʼekifo ekyʼawatukuvu ne lyonoonawo. Olwʼobujeemu eggye awamu nʼekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne buli kye lyakolanga ne kiba kya mukisa. Ne mpulira omutukuvu ngʼayogera, nʼomutukuvu omulala nʼagamba oyo eyayogera nti, “Okwolesebwa okwogera ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne ku bujeemu okuleeta okwonoona okungi, ne ku kuwaayo okwa watukuvu, ne ku batukuvu abalinnyirirwa, kulituukirira ddi era ebyo byonna birikoma ddi?” Nʼaŋŋamba nti, “Okutuusa ngʼennaku enkumi bbiri mu bisatu ziyiseewo.”

Awo nze Danyeri bwe namala okufuna okwolesebwa okwo nga nkyagezaako okutegeera amakulu gaakwo, laba ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ngʼekyʼomusajja. Ne mpulira eddoboozi lyʼomusajja emitala wʼomugga Ulaayi, eryakoowoola, ne lyogera nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu gʼokwolesebwa okwo.” Awo nʼasembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye nʼaŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana wʼomuntu, ngʼokwolesebwa, kwogera ku biro ebyʼenkomerero.” Awo bwe yali akyayogera nange, ne nkwatibwa otulo otungi ennyo, ngʼamaaso gange nga ngavuunise ku ttaka, ye nʼankwatako nʼangolokosa. Nʼayogera nti, “Laba, ndikumanyisa ebiribaawo mu biro ebyʼenkomerero ebyʼokubonaabona, kubanga okwolesebwa kwogera ku kiseera ekyalondebwa ekyʼenkomerero.

“Mu biro ebyʼenkomerero ebyʼokufuga kwabwe, abajeemu nga batandise okusobya ennyo, kabaka omuzira ate omukambwe, ngʼalina obukoddyo bungi alivaayo. Aliba nʼamaanyi mangi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta entiisa nnene, era aliba wa mukisa mu buli kyʼakola. Alizikiriza abantu abʼamaanyi nʼabantu abatukuvu. Aliba mulimba nnyo, nʼaleetera obulimba okweyongera, era alyegulumiza nnyo. Aligwikiriza abantu bangi nʼabazikiriza, era nʼalumba nʼOmukulu wʼabalangira. Wabula naye alizikirizibwa so si nʼamaanyi agʼobuntu. “Okwolesebwa okukwata ku biro ebyʼoku makya ne ku bya kawungeezi, kwe wafuna kwa mazima, naye sirikira okwolesebwa okwo, kubanga kwogera ku biro ebigenda okujja.”

“Wiiki nsavu ze ziweereddwa abantu bo nʼekibuga kyo ekitukuvu okukomya ebikolwa byabwe ebibi, nʼokuleka ebibi, nʼokutangiririrwa olwʼebikolwa ebitali bya butuukirivu, nʼokuleeta obutuukirivu obutaliggwaawo, nʼokukakasa ebyo ebyayolesebwa nʼebyo ebyalangibwa, nʼokufuka amafuta ku asinga obutukuvu. “Manya era tegeera ngʼokuva ne kaakano ekiragiro nga bwe kiweereddwa ku kuzzibwawo kwa Yerusaalemi nʼokutuusa ku kujja okwʼomufuzi oyo eyafukibwako amafuta, waliba ebbanga lya wiiki musanvu. Nʼoluvannyuma kirizimbibwa mu wiiki nkaaga mu bbiri ne kiteekebwamu enguudo nʼolusalosalo, newaakubadde nga biriba biro bya kutegana. Nʼoluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu abʼomufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga nʼawatukuvu, nʼenkomerero ye erijja ngʼamataba, nʼentalo era nʼokuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero. Alikola endagaano enywevu nʼabantu bangi okumala wiiki emu, naye wakati wa wiiki eyo aliggyawo emikolo gya ssaddaaka nʼebiweebwayo. Ne ku kiwaawaatiro ekyʼebyemizizo kulijjirako oyo aleeta okubonaabona, okutuusa ekiseera ekyʼenkomerero ekyalagirwa nga kituukiridde ku ye.”

Kaakano nzize okukunnyonnyola ebigenda okutuuka ku bantu bo mu biro ebyʼomu maaso; kubanga bye wayolesebwa byogera ku biro ebigenda okujja.”

Bakabaka bombi abaamalirira okukola ebyʼekyejo mu mitima gyabwe, balituula ku mmeeza emu, ne bakuusagana naye tewalibaawo kyamazima kiteesebwa kubanga enkomerero erituuka mu biro ebyalagirwa. Kabaka wʼobukiikakkono aliddayo mu nsi ye nʼobugagga bungi, nʼomutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu. Era alikola kye yateekateeka mu mutima gwe nʼoluvannyuma nʼaddayo mu nsi ye.

“Mu bbanga eryagerebwa, alirumba obukiikaddyo nate, naye ku luno tekiriba nga bwe kyali mu biro ebyʼolubereberye. Emmeeri ezʼe Kittimu zirimulwanyisa era aliggwaamu amaanyi, nʼoluvannyuma alikyuka okuddayo nʼasunguwalira endagaano entukuvu. Bwʼaliddayo alikolagana nʼabo abakyawa endagaano entukuvu. “Amaggye ge galigolokoka okugwagwawaza awatukuvu wa yeekaalu era aliggyawo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku. Nʼoluvannyuma balissaawo ebyʼemizizo ebireeta ennaku nʼokubonaabona. Alisendasenda abo abaajeemera endagaano, naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliyimirira ne bamuwakanya nʼamaanyi. “Abʼamagezi baliwabula bangi, newaakubadde nga balittibwa, nʼabalala ne bookebwa omuliro, nʼabalala ne bawambibwa, nʼabalala ne banyagibwa okumala akaseera katono. Bwe baligwa baliyambibwako akatono era bangi abatali ba mazima balibasendasenda ne babeegattako.

Abamu ku bamagezi balyesittala, balyoke balongoosebwe, batukuzibwe, baleme kuba na bbala mu kiseera ekyʼenkomerero, kubanga ebiro ebyo byategekebwa era birituukirira.

“Kabaka alikola nga bwʼayagala. Alyenyumiriza ne yeegulumiza okusinga katonda yenna, era alyogera ebitawulikikangako ku Katonda wa bakatonda. Aliba mugagga okutuusa ebiro ebyʼobusungu lwe birituukirira, kubanga ekyasalibwawo kiteekwa okutuukirira. Talissa kitiibwa mu bakatonda ba jjajjaabe newaakubadde oyo abakazi gwe beegomba, so talissa kitiibwa mu katonda yenna, naye alyegulumiza okusinga bonna. Mu kifo kyʼabo, alissa ekitiibwa mu katonda wʼembiri, katonda ataamanyibwa bajjajjaabe gwalitonera zaabu ne ffeeza, nʼamayinja agʼomuwendo nʼebirabo ebyʼomuwendo omungi. Alirumba embiri ezʼamaanyi ennyo ngʼayambibwako katonda omugwira, era abo abalissa ekimu naye, alibawa ekitiibwa kinene, nʼabawa nʼokufuga abantu bangi, nʼensi nʼagigabanyaamu olwʼamagoba.

“Mu biro ebyʼenkomerero kabaka wʼobukiikaddyo alimulumba, naye kabaka wʼobukiikakkono alifubutuka nʼajja okumusisinkana ngʼalina amagaali nʼabeebagala embalaasi, nʼemmeeri nnyingi, era alirumba ensi nnyingi nʼaziyitamu ngʼembuyaga. Alirumba Ensi Ennungi nʼawamba nʼamawanga mangi, naye Edomu ne Mowaabu nʼabakulembeze ba Amoni balimuwona. Okufuga kwe kulyeyongera mu mawanga mangi, ne Misiri nga mwʼomutwalidde. Alifuga amawanika aga zaabu ne ffeeza, nʼebyʼobugagga byonna ebya Misiri, nʼafuula Abalibiya nʼAbaesiyopiya okuba abaddu be. Naye amawulire agaliva mu buvanjuba ne mu bukiikakkono galimukanga, olwo nʼalyoka agolokoka mu busungu obungi ennyo okugenda okuzikiriza nʼokumalawo bangi ku bo. Alisimba eweema ze ezʼolubiri wakati wʼennyanja nʼolusozi olulungi era olutukuvu; era naye alikoma so tewaliba amuyamba.

“Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera ekyʼokubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kwʼamawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa. Bangi ku beebase mu nfuufu eyʼensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, nʼabalala eri ensonyi nʼokuswazibwa okutaggwaawo. Abo abalina okutegeera balyakaayakana ngʼokumasamasa kwʼomu bbanga; nʼabo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ngʼemmunyeenye emirembe nʼemirembe. Naye ggwe Danyeri, bikka era osse envumbo ku kitabo okutuusa ekiseera ekyʼenkomerero lwe kirituuka. Bangi balitambula eno nʼeri, era nʼokumanya nʼamagezi kulyeyongera.”

Nze Danyeri ne ndyoka ndaba, laba babiri abalala nga bayimiridde mu maaso gange, omu ku lubalama lwʼomugga olumu, nʼomulala ku lubalama lwʼomugga olulwolekedde. Omu ku bo nʼagamba omusajja, eyali waggulu wʼamazzi gʼomugga ngʼayambadde linena nti, “Kiritwala bbanga ki ebyewuunyisa ebyo byonna okutuukirira?” Omusajja eyali waggulu wʼamazzi gʼomugga ngʼayambadde linena, nʼayimusa omukono gwe ogwa ddyo nʼomukono gwe ogwa kkono eri eggulu, ne mmuwulira ngʼalayira eri oyo abeera omulamu emirembe nʼemirembe, ngʼayogera nti, “Waliyitawo ebbanga lya myaka esatu nʼekitundu. Era amaanyi gʼabantu abatukuvu bwe galimalibwawo, ebintu ebyo byonna ne biryoka bituukirira.”

Ne mpulira naye ne sitegeera. Kyennava mbuuza nti, “Mukama wange, biki ebiriva mu ebyo byonna?” Nʼanziramu nti, “Weetambulire makubo go, Danyeri, kubanga ebigambo bibikiddwako era nʼekitabo kissibbwako envumbo okutuusa ekiseera ekyʼenkomerero. Bangi balitukuzibwa ne balongoosebwa obutabaako na bbala, naye abatali batuukirivu balyeyongera okukola ebibi. Ku batali batuukirivu tekuliba ategeera, naye abʼamagezi baliba nʼokutegeera.

“Nʼokuva mu kiseera ekya ssaddaaka eya buli lunaku ngʼeggyiddwawo nʼebyʼemizizo ebizikiriza nga biteekeddwawo, waliyitawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda. Alina omukisa oyo alirindirira nʼatuuka ku nkomerero eyʼennaku olukumi mu bisatu mu asatu mu ttaano. “Naye ggwe tambula makubo go okutuusa enkomerero lwe lituuka. Oliwummula, ne ku nkomerero oligolokoka nʼoweebwa omugabo gwo gwe wategekerwa.”

“Ku lunaku olwo,” bwʼayogera Mukama, “olimpita nti, ‘mwami wange;’ toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’ ”

Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni. Nʼakagombe akʼokulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu. Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olwʼentiisa, kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde, era lunaatera okutuuka. Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olwʼekizikiza; olunaku olwʼebire ebingi nʼekizikiza ekikutte. Eggye eryʼenzige eryʼamaanyi ennyo, ngʼeryʼabantu abalwanyi abʼekitalo, libuutikidde ensozi. Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna ebyʼedda, era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo. Enzige ezikulembedde zirya ngʼomuliro ogwokya buli wantu, nʼezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ngʼennimi zʼomuliro. Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ngʼennimiro ya Adeni, naye gye ziva buli kimu zikiridde; ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere. Zifaanana ngʼembalaasi, era zidduka ngʼembalaasi ezʼentalo. Zigenda zibuuka ku nsozi nga zikekera ngʼamagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera; ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ngʼomuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga ziri ngʼeggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe. Abantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi, era bonna beeraliikirivu. Zirumba nʼamaanyi ngʼeggye eryʼabalwanyi, ne ziwalampa ebisenge ngʼabajaasi. Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi awatali kuwaba nʼakamu. Tezirinnyaganako, buli emu ekumbira mu kkubo lyayo. Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna, ne watabaawo kisobola kuziziyiza. Zifubutuka ne zigwira ekibuga. Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo. Zirinnya amayumba ne ziyingirira mu madirisa ngʼababbi bwe bakola. Zikankanya ensi era nʼeggulu ne lijugumira. Zibuutikira enjuba nʼomwezi, era nʼemmunyeenye tezikyayaka. Mukama akulembera eggye lye nʼeddoboozi eribwatuuka. Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi. Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi. Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu era lwa ntiisa nnyo. Ani ayinza okulugumira?

“Awo olulituuka oluvannyuma lwʼebyo, ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza ebyʼomu maaso; abakadde baliroota ebirooto, nʼabavubuka bammwe balyolesebwa. Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja nʼabakazi.

Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu ne ku nsi: omusaayi nʼomuliro nʼekikoomi ekyʼomukka. Enjuba erifuuka ekizikiza, nʼomwezi gulimyuka ngʼomusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olwʼentiisa nga terunnatuuka. Awo olulituuka buli alikoowoola erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka. Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abaliwona nga Mukama bwʼayogedde, ne mu abo abalifikkawo mulibaamu abo Mukama bʼaliyita.”

Kozesa oluwabyo lwo, kubanga ekiseera ekyʼamakungula kituuse. Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolero okutuusa envinnyo lwʼekulukuta, ekibi kyabwe kinene nnyo.” Abantu bukadde na bukadde abali mu kiwonvu ekyʼokusalirwamu omusango! Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde lwaliramulirako mu kiwonvu ekyʼokusalirwamu omusango. Ekizikiza kibuutikidde enjuba nʼomwezi, nʼemmunyeenye tezikyayaka. Mukama aliwuluguma ngʼayima ku Sayuuni; alibwatuka nʼeddoboozi lye ngʼasinziira mu Yerusaalemi. Eggulu nʼensi birikankana. Naye Mukama aliba ekiddukiro kyʼabantu be, era ekigo kyʼabaana ba Isirayiri ekyʼamaanyi.

“Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe, abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni. Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu, nga ne bannamawanga tebakyakirumba. “Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya, nʼobusozi bulikulukusa amata, nʼemigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi. Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama nʼefukirira ekiwonvu kya Sittimu. Misiri erifuuka amatongo nʼensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere olwʼebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda, ensi mwe battira abantu abatalina musango. Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna, ne Yerusaalemi kiribeerawo emirembe gyonna. Ndyesasuza olwʼomusaayi ogwʼabo abattibwa, era teriba mutemu asonyiyibwa. Kubanga Mukama abeera mu Sayuuni.”

Mu nnaku ezʼoluvannyuma olusozi lwʼennyumba ya Mukama luligulumizibwa okusinga ensozi zonna; lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi, era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli. Amawanga mangi galiragayo ne googera nti, “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo. Alituyigiriza byʼayagala tulyoke tutambulire mu makubo ge.” Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye, nʼekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi. Aliramula amawanga atereeze ensonga wakati wʼamawanga gakirimaanyi agʼewala. Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi, nʼamafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, so tebalyetegeka kulwana ntalo nate. Buli muntu aliba mu ddembe wansi wʼomuzabbibu gwe ne mu mutiini gwe. Tewalibaawo abatiisa kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.

Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi; ddala lunaatera okutuuka. Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ngʼaliko obuyinike bungi, nʼokukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo. Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike nʼokulaba ennaku, lunaku lwa mutawaana nʼokuzikirira, olunaku olwʼekikome nʼekizikiza, olunaku lwʼebire nʼekizikiza ekikutte ennyo; olunaku olwʼokufuuwa ekkondeere nʼokulangirira olutalo ku bibuga ebiriko ebigo nʼeri eminaala emigulumivu. Ndireeta, obuyinike ku bantu, batambule ngʼabazibe bʼamaaso, kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama, omusaayi gwabwe guliyiyibwa ngʼenfuufu, nʼebyenda byabwe bivundire kungulu. Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubataasa ku lunaku olwʼobusungu bwa Mukama. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro gwʼobuggya bwe, era alimalirawo ddala abo bonna abali mu nsi.

Noolwekyo munnindirire,” bwʼayogera Mukama. Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, ndireeta obwakabaka wamu okubayiwako obusungu bwange, nʼekiruyi kyange kyonna. Omuliro ogwʼobuggya bwange gulisaanyaawo ensi yonna.

Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera eyʼamawanga; bonna balikoowoola erinnya lya Mukama, okumuweereza nʼomwoyo gumu.

“Bwʼatyo bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, ‘Mu bbanga eritali lyʼewala ndikankanya eggulu nʼensi, nʼennyanja nʼolukalu. Ndikankanya amawanga gonna, nʼamawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye. ‘Effeeza yange, ne zaabu yange,’ bwʼayogera Mukama owʼeggye. ‘Ekitiibwa ekyʼennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa kyʼeri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.”

Olunaku lwa Mukama lujja, lwe muligabana bye mwanyaga. Ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna mu Yerusaalemi mu lutalo okukirwanyisa; ekibuga kiritwalibwa, enju zinyagibwe nʼabakazi bakwatibwe. Kimu kyakubiri ekyʼekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; naye abalala abalisigalawo tebaliggibwa mu kibuga. Awo Mukama alivaayo nʼalwanyisa amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olwʼolutalo.

Ku lunaku olwo ebigere bye biriyimirira ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde obuvanjuba bwa Yerusaalemi, era olusozi lwa Zeyituuni lulyabuluzibwamu ebitundu bibiri okuva Ebuvanjuba okudda Ebugwanjuba era lujjemu oguwonvu oguwanvu ennyo. Ekitundu ekimu ekyʼolusozi kidde mu Bukiikakkono ekirala mu Bukiikaddyo. Nammwe muliddukira mu kkubo eryʼomu kiwonvu ekyʼolusozi lwange kubanga ekiwonvu kirisitulirwa waggulu era muddukanga nga bwe mwadduka musisi eyayita mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda. Awo Mukama Katonda wange alijja nʼabatukuvu be bonna. Ku lunaku olwo teriba kitangaala, newaakubadde obunnyogovu wadde obutiti. Naye luliba lunaku lwa njawulo, awataliba misana wadde kiro: olunaku olumanyiddwa Mukama. Obudde bwe buliwungeera walibaawo ekitangaala. Ku lunaku olwo amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi; agamu gagende mu nnyanja eyʼEbuvanjuba nʼamalala mu nnyanja eyʼEbugwanjuba; mu kyeya ne mu ttoggo.

Mukama alibeera kabaka owʼensi zonna: ku lunaku olwo Mukama alibeera omu yekka nʼerinnya lye liribeera erinnya lyokka.

Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olwʼobukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka. Abantu balikibeeramu, tekigenda kuddayo kuzikirizibwa. Yerusaalemi kiriba kinywevu. Ono ye kawumpuli Mukama gwʼalikubisa amawanga gonna agaalwanyisa Yerusaalemi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyali balamu. Amaaso gabavundire mu biwanga, nʼennimi zibavundire mu kamwa. Ku lunaku olwo Mukama alireetera abantu ekyekango ekyʼamaanyi. Buli muntu alikwata omukono gwa munne nga balwanagana. Ne Yuda alirwanira mu Yerusaalemi era obugagga bwʼensi zonna eziriraanyeewo bukuŋŋaanyizibwe, zaabu nʼeffeeza nʼebyambalo bingi nnyo nga nabyo bikuŋŋaanyizibbwa. Era kawumpuli ngʼoli aligwa ku mbalaasi, ne ku nnyumbu, ne ku ŋŋamira, nʼendogoyi, ne ku nsolo zonna eziriba mu bisulo ebyo.

Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama kabaka owʼEggye era nʼokukwatanga embaga eyʼensiisira. Omuntu yenna mu nsi bwʼataagendenga Yerusaalemi kusinza Mukama Kabaka owʼEggye, taafunenga nkuba. Abamisiri bwe bataagendenga kwetabamu, tebaafunenga nkuba. Mukama anaabareeteranga kawumpuli, gwakubisa amawanga agatagenda kukwata mbaga eyʼensiisira. Ekyo kye kinaabanga ekibonerezo kya Misiri nʼamawanga gonna agataayambukenga kukwata mbaga ya nsiisira.

Ku lunaku olwo ekigambo kino, KITUKUVU ERI MUKAMA, kinaawandikibwa ku bide byʼembalaasi era nʼentamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya Mukama zinaabeeranga ngʼebibya ebitukuvu mu maaso gʼekyoto. Weewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga Mukama owʼEggye; nʼabo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama owʼEggye.

“Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olwʼokujja kwe, era ani aliyimirira ye bwʼalirabika? Kubanga ali ngʼomuliro gwʼoyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni owʼabayoza. Era alituula nʼatunula ngʼoyo alongoosa ffeeza nʼagimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, bakabona ba Katonda, era alibasengejja ngʼezaabu nʼeffeeza bwe bisengejjebwa; balyoke baweeyo ssaddaaka mu butuukirivu.

Ennimiro yʼensi, nʼensigo ennungi be baana bʼobwakabaka, naye omuddo be baana ba Setaani. Omulabe eyasiga ensigo ezʼomuddo ye Setaani, amakungula yʼenkomerero yʼensi nʼabakunguzi be bamalayika. “Noolwekyo ngʼomuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero yʼensi. Omwana wʼOmuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, nʼabajeemu, babasuule mu nkoomi yʼomuliro. Omwo mwe muliba okukaaba nʼokuluma obujiji. Naye abatuukirivu balyakaayakana ngʼenjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu agawulira, awulire.

“Era obwakabaka obwʼomu ggulu bufaanana ngʼakatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri, akatimba bwe kajjula ne bakawalulira ku lubalama ne balondamu ebirungi nga babikuŋŋaanyiza mu bisero, ebibi nga babisuula. Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero yʼensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu nʼababi. Ababi balibasuula mu nkoomi yʼomuliro eriba okukaaba nʼokuluma obujiji.”

Naye Yesu nʼabaddamu nti, “Obudde bwe buwungeera mugamba nti, obudde bujja kuba bulungi kubanga eggulu limyuse nnyo. Ate eggulu bwe limyuka ku nkya mumanya nti Olunaku lwonna obudde bujja kwefuukuula. Mumanyi bulungi endabika yʼeggulu nʼokwawula ebiseera, naye lwaki temusobola kutegeera bubonero bwa biro?

Kubanga Omwana wʼOmuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ngʼebikolwa bye bwe byali. Ddala ddala mbagamba nti Ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajja nʼobwakabaka bwe.”

Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana wʼOmuntu bwʼalituula ku ntebe ye eyʼekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi nʼebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi nʼebibiri.

Awo Yesu bwe yali ngʼatudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gyʼali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo nʼenkomerero yʼensi nti eri kumpi?” Yesu nʼabaddamu nti, “Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba. Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo’, era balirimba bangi. Munaatera okuwulira entalo nʼeŋŋambo zʼentalo. Temwekanganga, kubanga ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka. Amawanga galirwana ne gannaago, nʼobwakabaka bulirwana nʼobwakabaka, era walibaawo enjala mu bifo bingi ne musisi aliyuuguumya ebifo bingi. Naye bino byonna biriba ntandikwa butandikwa ngʼeyʼokulumwa okuzaala.”

“Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olwʼerinnya lyange. Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, nʼabalala baliryamu bannaabwe olukwe, nʼabalala ne bakyawagana. Era bannabbi abʼobulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi. Olwʼobujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola. Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa. Era Enjiri eyʼobwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna nʼoluvannyuma enkomerero nʼeryoka etuuka.”

“Noolwekyo bwe muliraba ‘ekyʼomuzizo ekyʼentiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere, nʼabo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi. Alibeera waggulu ku kasolya, takkanga kuyingira mu nnyumba ye kubaako byaggyamu. Nʼoyo alibeera mu nnimiro taddanga mu maka kunona lugoye lwe. Naye ziribasanga abakyala abaliba balina embuto, nʼabaliba bayonsa mu nnaku ezo. Naye musabe ekiseera kyʼokudduka kireme kutuukira mu biro bya butiti oba ku lunaku lwa Ssabbiiti. Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana. Singa ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde nʼomu alokolebwa. Naye olwʼabalonde be ennaku ezo zirikendezebwako.

Bwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga. Kubanga bakristo abʼobulimba balijja ne bannabbi abʼobulimba nabo balijja ne bakola ebyamagero ebyʼekitalo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye nʼabalonde ba Katonda. Laba mbalabudde nga bukyali!” “Noolwekyo omuntu bwʼabagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge ebyʼomunda, temukkirizanga. Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kwʼeraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, nʼokujja kwʼOmwana wʼOmuntu bwe kutyo. Era mukimanyi nti Awabeera ekifudde awo ensega we zikuŋŋaanira.”

“Amangu ddala ngʼokubonyaabonyezebwa kwʼomu nnaku ezo kuwedde, ‘enjuba eriggyako ekizikiza era nʼomwezi teguliyaka, nʼemmunyeenye zirigwa nʼamaanyi gʼeggulu galinyeenyezebwa.’ ” “Oluvannyuma lwʼebyo akabonero kʼOmwana wʼomuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kwʼamawanga gonna agʼomu nsi, era baliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajja ku bire byʼeggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene. Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi eryʼomwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olwʼeggulu okutuuka ku ludda olulala.”

“Kale muyigire ku lugero lwʼomutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera nga mumanya nti Ebiseera ebyʼebbugumu bisembedde. Bwe kityo nammwe, bwe muliraba ebintu ebyo byonna, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi. Ddala ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ngʼebintu ebyo byonna bituukiridde. Eggulu nʼensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.” “Tewali nʼomu amanyi lunaku wadde essaawa enkomerero wʼerituukira. Ne bamalayika abʼomu ggulu nabo tebakimanyi, newaakubadde Omwana naye takimanyi wabula Kitaffe yekka. Kubanga nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa, okujja kwʼOmwana wʼOmuntu nakwo bwe kuliba. Nga bwe kyali mu biseera byʼamataba, abantu nga balya nga banywa, nga bawasa nʼabalala nga bafumbirwa, olunaku ne lutuuka Nuuwa nʼayingira mu lyato, abantu ne batamanya, amataba ne gajja ne gabasaanyaawo ne buli kintu, bwe kutyo nʼokudda kwʼOmwana wʼOmuntu bwe kulibeera.

Mu biseera ebyo abasajja babiri baliba bakola mu nnimiro, omu nʼatwalibwa omulala nʼalekebwa. Abakazi babiri baliba basa ku mmengo zaabwe mu nnyumba yʼemu, omu nʼatwalibwa omulala nʼalekebwa.” “Noolwekyo mubeere beetegefu, kubanga olunaku Mukama wammwe lwʼaliddirako temulumanyi. Nga ssemaka bwʼakuuma amaka ge nga yeekuuma omubbi, nʼasigala ngʼatunula, nʼataganya mubbi kumuyingirira, nammwe bwe mutyo mweteeketeeke, kubanga Omwana wʼomuntu alijjira mu ssaawa gye mutamulowoolezaamu.”

“Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu abʼomu maka ge, nʼokubawa emmere mu kiseera ekituufu? Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gwʼalisanga ngʼakola bwʼatyo. Ddala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebibye byonna. Naye obanga omuddu omubi bwʼagamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’ nʼadda ku baddu banne nʼabakuba, nʼalya, nʼanywa nʼabatamiivu, okutuusa lwʼalidda. Mukama wʼomuddu oyo nʼakomawo ku lunaku lwʼatamusuubidde ne mu kiseera kyʼatamanyi, alimutemamu ebitundu bibiri, ebitundu bye nʼabiteeka awamu nʼabannanfuusi, eriba okukaaba nʼokuluma obujiji.”

“Obwakabaka obwʼomu ggulu bufaananyizibwa nʼabawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. Abataano tebaalina magezi, abataano abalala ne baba bʼamagezi. Abataalina magezi, ne batatwala mafuta gamala mu ttaala zaabwe. Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe agʼokweyambisa wamu nʼettaala zaabwe. Naye anaawasa omugole bwe yalwawo okutuuka otulo ne tubakwata bonna, ne beebaka. “Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, ‘Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!’ “Abawala embeerera bonna ne bazuukuka ne baseesa ettaala zaabwe. Awo abawala abataano abataalina magezi ne bagamba nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe zaagala kuzikira ziggweerera.’ “Naye bannaabwe ne babaddamu nti, ‘Amafuta ge tulinawo gatumala bumazi. Mugende mu maduuka mwegulireyo.’ “Naye baali baakagenda anaawasa omugole nʼatuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo. Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, ‘Ssebo, tuggulirewo!’ Naye nʼabaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!’ “Kale mutunule mweteeketeeke, kubanga temumanyi kiseera wadde olunaku.”

“Omwana wʼOmuntu bwʼalijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe eyʼekitiibwa kye. Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ngʼomusumba bwʼayawulamu endiga nʼembuzi. Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo nʼembuzi ku gwa kkono.

“Awo Kabaka nʼalyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kwʼensi. Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza, nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’ “Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala ne tukuliisa? Oba ngʼolina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? Oba ngʼoli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ngʼoli bwereere, ne tukwambaza? Twakulaba ddi ngʼoli mulwadde oba ngʼoli mu kkomera ne tukulambula?’ “Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’

“Bwʼatyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa, nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’ “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ngʼoli muyala oba ngʼoli muyonta, oba ngʼoli mugenyi oba ngʼoli bwereere oba mulwadde oba ngʼoli mu kkomera, ne tutakuyamba?’ “Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’ “Abo baligenda ku kibonerezo ekyʼemirembe nʼemirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”

Yesu nʼaddamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana wʼOmuntu ngʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼakomawo ku bire ebyʼeggulu.”

Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, nʼebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana wʼOmuntu alimukwatirwa ensonyi bwʼalijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”

Awo Yesu nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Abamu ku bantu abali wano tebalifa okuggyako nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda nga bujja nʼamaanyi.”

“Tutegeeze, ebintu byonna we birituukirira, era nʼakabonero akalibaawo ngʼebyo byonna bigenda okutuukirira.” Yesu nʼabagamba nti, “Mwekuume omuntu yenna tababuzaabuzanga. Bangi abalijja mu linnya lyange nga bagamba nti Nze nzuuyo era balibuzaabuza bangi Naye bwe muliwulira entalo, nʼeŋŋambo ezʼentalo, temutyanga. Kyetaaga ebyo byonna okubaawo naye enkomerero eriba tennatuuka. Kubanga amawanga galirwanagana, nʼobwakabaka bulirwana nʼobwakabaka, era musisi aliyita mu bifo bingi, nʼenjala nnyingi erigwa. Okulumwa ngʼokwʼokuzaala kuliba kutandika butandisi.”

“Mwekuume mmwe. Balibaawo mu mbuga zʼamateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali. Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna. Bwe bali bakwata ne babawaayo, temweraliikiriranga kya kuwoza. Kye munaaweebwanga okwogera mu kiseera ekyo kye munaayogeranga kubanga si mmwe muliba mwogera wabula Mwoyo Mutukuvu yʼaliba ayogerera mu mmwe.” “Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe wʼomwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe ne babatta. Mulikyayibwa abantu bonna, olwʼerinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero yʼalirokolebwa.”

“Bwe mulabanga ekintu ekyʼomuzizo ekizikiriza, nga kiyimiridde mu kifo we kitasaanira (asoma bino, weetegereze) abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi. Nʼoyo alibeera waggulu ku nnyumba takkanga wadde okuyingira okubaako kyʼatwala okuva mu nnyumba ye. Nʼoyo alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala bintu bye, wadde okukima yo olugoye lwe. Naye ziribasanga abaliba embuto nʼabaliba bayonsa mu nnaku ezo. Naye musabe ekiseera ekyo kireme kuba kya butiti. Kubanga ekiseera ekyo kiriba kya ntiisa etebeerangawo kasookedde Katonda atonda eggulu nʼensi, nʼokutuusa kaakano nʼemirembe egigenda okujja. Era singa Mukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonyeewo muntu yenna, naye olwʼabalonde be, ennaku ezo yazikendeezaako.

Era omuntu yenna singa abagamba nti, ‘Mulabe, Kristo wuuli,’ temumukkirizanga. Kubanga walibaawo bakristo bangi abʼobulimba, ne bannabbi bangi abʼobulimba abalikola ebyʼamagero nʼebyewuunyo, nga bagenderera okulimba nʼabalonde bennyini bwe kiriba kisoboka. Naye mwekuume! Kubanga mbalabudde ngʼebintu bino byonna tebinnabaawo.”

“Ennaku ezʼentiisa eyo nga ziweddeko, ‘enjuba eriggyako ekizikiza, era nʼomwezi ne gulekeraawo okwaka, era, emmunyeenye zirikunkumuka, nʼaboobuyinza abʼomu bbanga balikankana.’ ” “Olwo muliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajjira ku bire nʼamaanyi mangi nʼekitiibwa kinene, Era alituma bamalayika okukuŋŋaanya abalonde be okuva eri empewo ennya, nʼokuva ensalo zʼensi gye zikoma okutuuka ensalo zʼeggulu gye zikoma.”

“Muwulire omuti omutiini kye guyigiriza. Bwe gutandika okutojjera, mumanya nti amakungula ganaatera okutuuka. Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu bino nga bibaawo, mulimanyira ddala ngʼekiseera kisembedde. Ddala ddala mbagamba nti Omulembe guno tegugenda kuggwaako okutuusa ngʼebintu byonna bimaze okubaawo. Eggulu nʼensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe nʼemirembe.” “Naye ebyʼolunaku olwo oba ekiseera ekyo tewali nʼomu abimanyi, newaakubadde bamalayika mu ggulu wadde Omwana okuggyako Kitaffe. Mwekuume, mutunule kubanga temumanyi kiseera we kirituukira. Ngʼomusajja eyatambula olugendo nʼategekera abaddu be, buli omu nʼamuwa obuyinza ngʼomulimu gwe bwe guli, nʼalagira omuggazi wʼoluggi atunule alindirire.” “Noolwekyo mwekuume kubanga temumanyi mukama wa nnyumba wakomerawo oba kawungeezi, oba mu ttumbi, oba ngʼenkoko zikookolima, oba ngʼobudde bukya, si kulwa ngʼakomawo nga temumanyiridde, nʼabasanga nga mwebase. Kye mbagamba mmwe, kye ŋŋamba buli muntu, mwekuume.”

Yesu nʼaddamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana wʼOmuntu ngʼatudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ngʼakomawo mu bire ebyʼeggulu.”

Buli alinkwatirwa ensonyi, nze nʼebigambo byange, nʼOmwana wʼOmuntu, alimukwatirwa ensonyi, bwʼalijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu. Naye ddala ddala mbagamba nti Abamu ku abo abayimiridde wano waliwo abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda.”

“Mube beetegefu olwʼobuweereza, era mukuume ettabaaza zammwe nga zaaka. Mube ngʼabasajja abalindirira mukama waabwe; bwʼakomawo okuva mu mbaga yʼobugole, nʼakonkona banguwa okumuggulirawo oluggi. Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe baalisanga nga batunula. Ddala ddala mbagamba nti, agenda kwambala atuuze abaddu abo ku mmeeza abagabule. Balina omukisa abo, bwʼalijja mu kisisimuka ekyokusatu, baalisanga nga batunula. “Naye mutegeere kino: Singa nnyini nnyumba amanya essaawa omubbi wʼanaayingirira okumenya ennyumba ye, omubbi teyandisobodde kugimenya, kubanga yandimusanze yeeteeseteese. Noolwekyo mubeere beetegefu. Kubanga Omwana wʼOmuntu, ajjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”

Aweereddwa omukisa mukama we bwʼalikomawo gwʼalisanga ngʼatuukiriza bulungi emirimu gye. Ddala ddala mbagamba nti mukama we alimukwasa okulabirira ebintu bye byonna. Naye singa omuddu oyo alowooza mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange ajja kulwawo okudda,’ nʼadda ku baweereza banne, abasajja nʼabakuba, nʼebiseera bye nʼabimala mu kulya ne mu kunywa ne mu kutamiira, mukama we agenda kudda mu kiseera wʼatamusuubirira, amutemeeteme, era amusuule eyo abatakkiriza gye bali. “Omuweereza oyo eyamanya mukama we byʼayagala akole, kyokka ye nʼatabikola agenda kuweebwa ekibonerezo kinene.

Awo Yesu nʼakyukira ekibiina nʼabagamba nti, “Bwe mulaba ebire nga byekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti, ‘Enkuba egenda kutonnya,’ era nʼetonnya. Ate empewo bwʼekunta ngʼeva ku bukiikaddyo, mugamba nti, ‘Leero akasana kajja kwaka nnyo,’ era bwe kiba. Bannanfuusi mmwe! Musobola bulungi okunnyonnyola obubonero obuli ku nsi ne mu bbanga, muyinza mutya obutamanya obubonero obwʼomu kiseera kino?

Oluvannyuma nʼagamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku zʼOmwana wʼOmuntu, naye temulirulaba. Balibagamba nti lwe luno era nti lwe luli temugendanga era temubagobereranga. Kubanga ngʼeggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olwʼeggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olwʼeggulu, bwʼatyo bwʼaliba Omwana wʼOmuntu ku lunaku lwe,

Naye okusooka kimugwanira okubonaabona mu bintu bingi, nʼokugaanibwa, abantu abʼomulembe guno. “Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa era bwe kityo bwe kiriba ne mu nnaku zʼOmwana wʼOmuntu. Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu. “Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba, okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro nʼolunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu. “Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana wʼOmuntu lwʼalirabikirako.

Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. Nʼabo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo. Mujjukire mukazi wa Lutti! Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya.

Mbagamba nti Ku lunaku olwo abantu babiri baliba ku kitanda kimu, Omu alitwalibwa naye munne nʼalekebwa. Abantu babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa. Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.” Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?” Yesu nʼabaddamu nti, “Awaba ekifudde awo empungu we zirikuŋŋaanira!”

Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana nʼekiro ate ngʼabagumiikiriza? Mbagamba nti Agenda kubalamula mangu. Naye Omwana wʼOmuntu, bwʼalijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”

Nʼayongera nʼabagamba nti, “Amawanga galirwanagana, nʼobwakabaka ne bulwanagana ne bunaabwo. Wagenda kubeerawo musisi owʼamaanyi ennyo, nʼenjala ennyingi mu bitundu ebyʼenjawulo, ne kawumpuli. Walibaawo nʼebyentiisa ate nʼobubonero okuva mu ggulu.

“Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lwʼerinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera. Kiribaviiramu okufuna omukisa okuba abajulirwa bange. Naye temweraliikiriranga gye muliggya ebigambo ebyʼokuwoza, Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo nʼamagezi ebiriremesa nʼabalabe bammwe okubaako nʼekyʼokuddamu! Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe. Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange. Naye nʼoluviiri olumu bwe luti olwʼoku mitwe gyammwe terulizikirira. Kubanga bwe muligumiikiriza muliwonya obulamu bwammwe.”

“Bwe mulabanga nga Yerusaalemi kyetoolooddwa amaggye, nga mutegeera nga Okuzikirizibwa kwʼekibuga ekyo kutuuse. Abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi, abaliba mu Yerusaalemi bakivangamu ne badduka, nʼabo abalibeera mu nnimiro tebakomangawo mu kibuga. Kubanga ebyo bye biriba ebiseera Katonda mwaliwolera eggwanga, nʼebigambo ebiri mu Byawandiikibwa birituukirizibwa. Nga ziribasanga abakazi abaliba embuto nʼabayonsa! Kubanga eggwanga liribonaabona, nʼabantu baalyo balisunguwalirwa. Abamu balittibwa nʼekitala kyʼomulabe, abalala balikwatibwa ne bawaŋŋangusibwa mu mawanga gonna amalala agʼoku nsi. Yerusaalemi kiriwangulwa bannaggwanga ne bakirinnyirira okutuusa ekiseera kyabwe ekyʼobuwanguzi lwe kirikoma mu kiseera Katonda kyʼaliba ateesezza.”

“Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olwʼabʼamawanga, ngʼabantu basamaaliridde olwʼennyanja eziyira nʼamayengo ageesiikuula. Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olwʼebirijja ku nsi; kubanga amaanyi gʼeggulu galinyeenyezebwa. Mu kiseera ekyo muliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajjira mu kire nʼobuyinza nʼekitiibwa kingi. Kale ebintu ebyo bwe bitandikanga muyimiriranga butereevu ne muyimusa amaaso gammwe waggulu! Kubanga okulokolebwa kwammwe nga kusembedde.”

Awo Yesu nʼabagerera olugero luno nti, “Mutunuulire omuti omutiini nʼemiti emirala gyonna. Bwe mulaba nga gitandise okutojjera, mumanya nga Ekyeya kiri kumpi. Mu ngeri yʼemu bwe mulabanga ebyo nga bibaawo, nga mutegeera nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okutuuka. “Ddala ddala mbagamba nti Ebyo byonna birimala kubaawo nʼomulembe guno ne gulyoke guggwaawo. Eggulu nʼensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo. “Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu nʼokutamiira, nʼokweraliikirira ebyʼobulamu, okujja kwange okwʼamangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ngʼabagudde mu mutego. Kubanga olunaku olwo lulituuka ku buli muntu mu nsi yonna. Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana wʼOmuntu bwʼalijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”

Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi lyʼOmwana wa Katonda, era nʼabaliwulira baliba balamu. Kubanga nga Kitaawe wʼOmwana bwʼalina obulamu mu ye, bwʼatyo bwe yawa Omwana okuba nʼobulamu mu ye, era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana wʼOmuntu. “Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.

Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye. Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera.

Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba. Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ngʼagenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika, ne boogera nti, “Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako nʼatwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri yʼemu nga bwe mumulabye ngʼagenda mu ggulu.”

Okubonaabona kwe tubonaabona kaakano kutono nnyo bwe kugeraageranyizibwa nʼekitiibwa ekiritubikulirwa. Ebitonde birindirira nʼessuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa.

Kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bwʼayogera Mukama, ‘buli vviivi lirinfukaamirira era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ”

Kaakano Katonda owʼemirembe ajja kubetentera Setaani wansi wʼebigere byammwe, mangu. Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga nammwe.

Naye Omuntu bwʼaguzimbisaako ezaabu, effeeza, nʼamayinja agʼomuwendo nʼemiti, nʼessubi, oba ebisasiro; omulimu gwa buli omu gulirabibwa, kubanga omuliro guligwolesa ku lunaku olwo, era omuliro ogwo gwe gulyoreka omulimu gwa buli omu nga bwe guli. Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera. Naye omulimu gwʼomuntu yenna bwe gulyokebwa omuliro, alifiirwa, kyokka ye yennyini alirokolebwa, naye ngʼayita mu muliro.

Noolwekyo temusalanga musango ekiseera nga tekinnatuuka okutuusa Mukama waffe lwʼalijja, alimulisa ebyakwekebwa ebyʼekizikiza, nʼayolesa nʼebigendererwa byʼomutima, buli muntu nʼalyoka atendebwa Katonda.

Omuntu ngʼoyo mumuweeyo eri Setaani omubiri gwe guzikirizibwe, omwoyo gwe gulyoke gulokolebwe ku lunaku lwa Mukama waffe. Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Temumanyi ngʼekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?

Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti Omubiri guno ogwʼoku nsi, ogwʼennyama nʼomusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera. Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe eyʼenkomerero bwʼerivuga ffenna tulifuusibwa mu kaseera katono ngʼokutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, nʼabafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa.

buli vviivi eryʼabo abali mu ggulu nʼabali ku nsi, era nʼabali wansi wʼensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Kristo atuwa obulamu, bwʼalirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

era ne bwe mulindiridde Omwana wa Katonda, okukomawo okuva mu ggulu, gwe yazuukiza okuva mu bafu, ye Yesu oyo yekka atulokola okutuwonya mu busungu bwa Katonda obugenda okujja.

Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera ebyʼabo abafu, ne munakuwala ngʼabalala abatalina ssuubi. Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era nʼazuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu. Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa.

Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu nʼeddoboozi eryʼomwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, nʼekkondeere lya Katonda, nʼabo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.

Naye ku bikwata ku byʼentuuko nʼebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira. Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ngʼomubbi bwʼajja ekiro. Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ngʼokulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona nʼakatono. Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ngʼabayingiriddwa omubbi;

Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ngʼayita mu Mukama waffe Yesu Kristo, eyatufiirira ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tulyoke tubeere balamu wamu naye.

ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olwʼokugumiikiriza kwammwe nʼokukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu nʼokubonaabona bye mugumiikiriza. Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera, ate ngʼabo ababanyigiriza alibabonereza nga bwe kibagwanidde. Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bwʼaliva mu ggulu, ne bamalayika be abʼamaanyi, mu muliro ogwaka, nʼabonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu. Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe nʼemirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, nʼekitiibwa kyʼamaanyi ge. Bwʼalijja okugulumizibwa mu batukuvu be ku lunaku luli abo bonna abamukkiriza balyewuunya kubanga mwakkiriza bye twabategeeza ku ye.

Kaakano abooluganda, ku byʼokukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era nʼokukuŋŋaanyizibwa okumusisinkana, tubasaba muleme okweraliikirira wadde emitima okubeewanika newaakubadde olwʼomwoyo, newaakubadde olwʼekigambo wadde olwʼebbaluwa, ebirabika ngʼebivudde gye tuli, nga biranga nti olunaku lwa Mukama lutuuse. Omuntu yenna tabalimbalimbanga mu ngeri yonna; kubanga okuggyako ngʼobujeemu busoose okujja, nʼomuntu oli owʼobujeemu, omwana wʼokuzikirira ngʼamaze okulabisibwa, oyo alivvoola Katonda ne yeegulumiza okusinga ebintu byonna nga yeeyita katonda oba ekissibwamu ekitiibwa atuule mu yeekaalu ya Katonda omwo nga yeefuula okuba Katonda.

Temujjukira ngʼebyo nabibategeeza bwe nnali nammwe? Era ekikyamuziyizza mukimanyi kubanga tagenda kujja okutuusa ngʼekiseera kye kituuse. Kubanga ekyama kyʼobujeemu kyatandika dda okukola, naye ye yennyini tagenda kujja okutuusa oyo amuziyiza lwʼaliva mu kkubo. Olwo omuntu owʼobujeemu alyoke alabisibwe, Mukama waffe Yesu gwʼalimalawo nʼomukka ogwʼomu kamwa ke nʼamuzikiriza nʼokulabisibwa kwʼokujja kwe. Omuntu oyo alijjira mu maanyi ga Setaani gonna nʼakola obubonero nʼebyʼamagero, ebyʼobulimba, era nʼobulimba obwa buli ngeri obwʼobutali butuukirivu eri abo abazikirizibwa, kubanga bagaana okukkiriza amazima okulokolebwa. Katonda kyava abawaayo eri okubuzibwabuzibwa okwʼamaanyi bakkirize ebyʼobulimba. Era bonna balyoke basalirwe omusango olwʼokukkiriza obulimba, ne bagaana amazima ne basanyukira okukola ebitali bya butuukirivu.

okuumenga ekiragiro nga tekiriiko bbala, wadde ekyʼokunenyezebwa okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo, kwʼaliraga mu ntuuko zaakwo, aweebwa omukisa era nnannyini buyinza yekka, Kabaka wa bakabaka bonna, era Mukama wa bakama, ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali nʼomu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, nʼobuyinza obutaggwaawo, Amiina.

Naye tegeera kino nga mu nnaku ezʼoluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu. Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, nga ba nkwe, nga baagala ebyʼamasanyu okusinga bwe baagala Katonda; nga balina ekifaananyi ekyʼokutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu abʼengeri eyo obeewalanga.

Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu nʼabafu omusango, era nʼolwʼokujja kwe, nʼolwʼobwakabaka bwe, buuliranga ekigambo kya Katonda, ngʼoli mwetegefu mu kiseera ekituufu nʼekitali kituufu, ngʼolaga ebikwekeddwa, ngʼonenya, ngʼozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, nʼokubonaabona okungi, nʼokuyigiriza. Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olwʼokugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira. Baligaana okuwuliriza ebyʼamazima, ne bagoberera enfumo obufumo. Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ngʼokola omulimu ogwʼomubuulizi wʼenjiri, ngʼotuukiririza ddala obuweereza bwo.

Kye nsigazza kwe kufuna engule eyʼobutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gyʼalimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa nʼabo bonna abeegomba okujja kwe.

nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, nʼokulabika kwʼekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;

Ayongera nʼagamba nti, “Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gwʼensi, era nʼeggulu mirimu gwa mukono gwo. Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna, era byonna birikaddiwa ngʼekyambalo bwe kikaddiwa. Era olibizingako ngʼekooti bwe zingibwako, era birikyusibwa ngʼekyambalo bwe kikyusibwa. Naye ggwe oba bumu, so nʼemyaka gyo tegirikoma.”

Ebifaananyi byʼebintu ebyʼomu ggulu kyebiva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu ebyʼomu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo. Kubanga Kristo teyayingira mu kifo kya Watukuvu wʼAwatukuvu ekyakolebwa nʼemikono gyʼabantu, naye yayingira mu ggulu mwennyini gyʼali kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe. Kristo teyayingira mu ggulu kwewangayo mirundi mingi, nga Kabona Asinga Obukulu bwʼayingira mu Watukuvu wʼAwatukuvu buli mwaka nʼomusaayi ogutali gugwe, kubanga kyali kimugwanira okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kwʼensi. Naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero yʼomulembe, ne yeewaayo yennyini ngʼekiweebwayo. Ngʼabantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu nʼoluvannyuma okulamulwa ne kutuuka, era ne Kristo bwʼatyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi byʼabantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.

Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ngʼabamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lwʼokudda kwa Mukama waffe lusembedde.

Abakazi baddizibwa abantu baabwe abaali bafudde ne bazuukira. Abalala baabonyaabonyezebwa okutuusa okufa, nga tebalokolebbwa, balyoke bafune obulamu obusingako nga bazuukidde.

Kale, mmwe abagagga, mukaabe era mwaziirane. Mugenda kujjirwa ennaku. Ebyʼobugagga byammwe bivunze, nʼebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwa byo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ngʼomuliro. Mweterekera obugagga olwʼennaku ezʼoluvannyuma.

Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ngʼomulimi bwʼagumiikiriza ngʼalindirira enkuba eya ddumbi nʼeya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere. Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi.

Ekisooka, mutegeerere ddala nga mu nnaku ezʼoluvannyuma abantu abagoberera okwegomba kwʼomubiri gwabwe balijja mu mmwe nga babasekerera, nga bwe bagamba nti, “Eyasuubiza nti alijja, aluwa? Kubanga kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri nga bwe byabanga okuva ensi lwe yatondebwa!” Beefuula abatamanyi nti Edda Katonda yalagira bulagizi, era olwʼekigambo eggulu nʼensi ne bitondebwa. Olwʼekigambo kya Katonda ensi yatondebwa ngʼeggyibwa mu mazzi era nʼebeera wakati wʼamazzi. Era olwʼekigambo ekyo ensi eyo eyʼedda, amazzi gaagisaanyaawo nʼezikirira. Era olwʼekigambo ekyo, eggulu nʼensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olwʼokusalirako omusango, nʼokuzikirizibwa kwʼabo abatatya Katonda.

Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ngʼolunaku olumu, era nʼolunaku olumu luli ngʼemyaka olukumi. Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ngʼabamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.

Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ngʼomubbi bwʼajja nga tewali nʼomu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, nʼebiririko birizikirizibwa nʼomuliro, era ensi nʼebintu ebigirimu birisirikka. Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda, nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna bwe buryokebwa ne buzikirizirwa nʼebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka. Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya nʼensi empya omuli obutuukirivu.

Ensi nʼokwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda byʼayagala abeerera emirembe gyonna. Baana bange, ekiseera ekisembayo kituuse. Mwategeezebwa ngʼOmulabe wa Kristo bwʼagenda okujja, era ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi, era kwe tutegeerera ngʼekiseera ekisembayo kituuse. Abantu abo tebaali baffe ddala, era kyebaava batwawukanako, kubanga singa baali baffe ddala bandisigalidde ddala mu ffe. Naye baatuvaako kiryoke kitegeerekekere ddala nga bonna si bʼewaffe.

Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi abʼobulimba bangi mu nsi. Eno yʼengeri gye tutegeeramu Mwoyo wa Katonda: buli ayatula nti Yesu Kristo yafuuka omubiri, ngʼava eri Katonda, oyo yʼalina Mwoyo wa Katonda. Naye buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo ogwʼOmulabe wa Kristo, gwe mwawulira nti ajja mu nsi, era amaze okutuuka. Mmwe, abaana abaagalwa, muli ba Katonda era mumaze okuwangula, kubanga oyo ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi. Bo ba nsi era boogera bya nsi, era abantu bʼensi kyebava babawuliriza. Naye ffe tuli bantu ba Katonda, era buli amanyi Katonda atuwuliriza; atali wa Katonda tatuwuliriza. Eyo yʼengeri gye tusobola okwawulamu omwoyo ogwʼamazima nʼomwoyo ogwʼobulimba.

Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bwʼatyo mulimba era mulabe wa Kristo. Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna. Buli asukka ku ebyo Kristo byʼayigiriza nʼatabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe nʼOmwana. Omuntu yenna bwʼajja gye muli, nʼatayigiriza bwʼatyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, nʼokulamusa temumulamusanga. Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.

Enoka eyaliwo nga wayiseewo emirembe musanvu okuva ku Adamu, abantu bano yaboogerako ebyʼobunnabbi nti, “Mulabe Mukama ajja nʼabatukuvu be abangi ennyo. Alireeta abantu bonna mu maaso ge basalirwe omusango mu bwenkanya olwʼebikolwa byabwe bonna abatatya Katonda, bye baakola mu bugenderevu, nʼolwʼebigambo byonna ebizibu abakozi bʼebibi bye bamwogeddeko ebyʼobutatya Katonda.”

Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu. Kristo yakimanyisa ngʼatuma malayika we eri omuweereza we Yokaana

Laba, ajja nʼebire, na buli liiso lirimulaba, nʼabaamufumita balimulaba, era nʼamawanga gonna ku nsi galimukungubagira. Weewaawo. Amiina!

Olwokubanga wakwata ekigambo kyange ekyʼokugumiikiriza, nange ndikuwonya ekiseera ekyʼokugezesebwa ekinaatera okujja. Nzija mangu! Nnyweza kyʼolina waleme kubaawo akutwalako ngule yo. Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, mwʼataliva emirembe gyonna, era ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, nʼerinnya lyʼekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva mu ggulu eri Katonda wange nʼerinnya lyange eriggya.

Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ngʼoyokya oba ngʼonnyogoga. Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange. Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso nʼotomanya ngʼoli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe wʼamaaso era ali obwereere. Nkuwa amagezi onguleko ebya zaabu, eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale. Era onguleko ebyambalo ebyeru, obyambale, owone ensonyi ezʼokuyita obwereere; onguleko nʼomuzigo osiige ku maaso go, osobole okulaba. Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya.

Laba, oluvannyuma lwʼebyo ne ndaba oluggi oluggule mu ggulu, era ne mpulira nʼeddoboozi lye limu lye nawulira olubereberye eryali livuga ngʼeryekkondere nga liŋŋamba nti, “Yambuka wano nkulage ebyo ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa biri.”

Awo ne ndaba omuzingo gwʼekitabo mu mukono ogwa ddyo ogwʼOyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, nga guwandiikiddwamu munda ne kungulu era nga guteekeddwako obubonero bwʼenvumbo musanvu. Ne ndaba malayika owʼamaanyi ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼabuuza nti, “Ani asaanidde okubembulula obubonero obusibiddwa ku muzingo gwʼekitabo guno alyoke aguzingulule?” Ne wataba nʼomu mu ggulu newaakubadde ku nsi, wadde wansi wʼensi, eyayinza okugwanjuluza wadde okugutunulamu. Awo ne nkaaba amaziga mangi, kubanga tewaalabikawo nʼomu eyasaanira okwanjuluza omuzingo newaakubadde okugutunulamu. Awo omu ku bakadde abiri mu abana nʼaŋŋamba nti, “Lekeraawo okukaaba, kubanga, laba, empologoma eyʼomu kika kya Yuda, owʼomu lulyo lwa Dawudi, yawangula, era yʼayinza okukutula obubonero omusanvu obwʼenvumbo nʼokuzingulula omuzingo gwʼekitabo.” Ne ndaba nga ali ngʼOmwana gwʼEndiga ngʼattiddwa ngʼayimiridde wakati wʼentebe eyʼobwakabaka nʼebiramu ebina, ne wakati wʼabakadde, ngʼalina amayembe musanvu nʼamaaso musanvu, gyʼemyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu ekyʼensi. Nʼasembera nʼaggya omuzingo gwʼekitabo mu mukono ogwa ddyo ogwʼOyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka. Bwe yagukwata, ebiramu ebina nʼabakadde amakumi abiri mu abana, ne bagwa mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga ne bavuunama, buli omu ngʼalina ennanga era ngʼakutte ekibya ekya zaabu, ekyali kijjudde obubaane obwakaloosa nga butegeeza okusaba kwʼabantu abatukuvu. Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti, “Ggwʼosaanidde okutoola omuzingo gwʼekitabo, nʼokusumulula ebigusibye nʼokuguzingulula, kubanga wattibwa, omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika, na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi. Nʼobafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda okumuweerezanga, era be balifuga ensi.”

Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi nʼenkumi, nʼenkuyanja nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka awamu nʼebiramu biri nʼabakadde bali. Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omwana gwʼEndiga eyattibwa, asaanidde okuweebwa obuyinza, nʼobugagga, nʼamagezi nʼamaanyi, nʼekitiibwa, nʼettendo nʼokwebazibwa!” Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi wʼensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, nʼettendo, nʼekitiibwa, nʼamaanyi byʼOyo atudde ku ntebe yʼobwakabaka awamu nʼOmwana gwʼEndiga, emirembe nʼemirembe.” Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” Nʼabakadde ne bavuunama ne bamusinza.

Awo ne ndaba Omwana gwʼEndiga ngʼabembulula akamu ku bubonero bwʼenvumbo; ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera nʼeddoboozi eryawulikika ngʼokubwatuka nga kigamba nti, “Jjangu!” Ne ndaba, era laba, embalaasi enjeru, ngʼagyebagadde alina omutego ogulasa akasaale; nʼaweebwa engule nʼagenda ngʼawangula, nʼawangulira ddala.

Bwe yabembulula akabonero kʼenvumbo akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kyogera nti, “Jjangu!” Ne wavaayo embalaasi endala nga myufu, eyali agyebagadde nʼaweebwa ekitala ekiwanvu, nʼaweebwa nʼobuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, nʼokuleeta entalo wakati wʼabantu, battiŋŋane bokka na bokka.

Bwe yabembulula akabonero kʼenvumbo akokusatu ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kyogera nti, “Jjangu!” Era laba, ne ndaba embalaasi enzirugavu nʼeyali agyebagadde ngʼakutte minzaani mu mukono gwe. Ne mpulira eddoboozi eryawulikika ngʼeriva wakati wʼebiramu ebina nga ligamba nti, “Omugaati gumu gugula ddinaali, ne kilo yʼobuwunga bwa sayiri nayo bwʼeba egula, kyokka omuzigo ne wayini tobyonoona.”

Bwe yabembulula akabonero kʼenvumbo akookuna ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu!” Ne ndaba, era laba, embalaasi eyʼerangi ensiiwuukirivu nʼeyali agyebagadde ngʼayitibwa Walumbe, ne Magombe nʼagenda naye. Ne baweebwa okufuga ekitundu ekyokuna ekyʼensi, okutta nʼekitala, nʼenjala, nʼolumbe, nʼensolo enkambwe ezʼoku nsi.

Bwe yabembulula akabonero kʼenvumbo akookutaano ne ndaba wansi wʼekyoto emyoyo egyʼabo abattibwa olwʼokubuulira ekigambo kya Katonda nʼolwʼokuba abeesigwa mu bujulizi bwabwe. Ne bakaabirira Mukama nʼeddoboozi eryʼomwanguka nga bagamba nti, “Ayi Mukama, Omutukuvu era owʼamazima, onoosalira ddi abantu bʼensi omusango, nʼowoolera eggwanga olwʼomusaayi gwaffe?” Buli omu ku bo nʼaweebwa ekyambalo ekyeru, era ne bagambibwa okugira nga bawummulako okutuusa baganda baabwe abalala era baweereza bannaabwe aba Yesu abaali bagenda okuttibwa, lwe balibeegattako.

Awo ne ndaba ngʼabembulula akabonero kʼenvumbo akʼomukaaga; ne wabaawo musisi owʼamaanyi ennyo, era enjuba nʼeddugala nʼefuuka nzirugavu ngʼekikutiya ekyakolebwa mu bwoya, nʼomwezi gwonna ne gumyuka ngʼomusaayi. Awo emmunyeenye ezʼomu ggulu ne zigwa ku nsi ngʼomutiini bwe gukunkumula emitiini egitanayengera olwa kibuyaga owʼamaanyi, nʼeggulu ne lyezingako ngʼomuzingo gwʼekitabo bwe gwezingazinga na buli lusozi na buli kizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo. Bakabaka bʼensi, nʼabafuzi abʼoku ntikko nʼabantu abagagga, nʼabakulu bʼamaggye nʼabʼamaanyi, na buli muddu nʼowʼeddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi zʼensozi. Ne bagamba ensozi nti, “Mutugweko mutukweke mu maaso gʼOyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, ne mu busungu bwʼOmwana gwʼEndiga. Kubanga olunaku olukulu olwʼobusungu bwabwe lutuuse era ani ayinza okugumira obusungu bwabwe!”

Oluvannyuma lwʼebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ezʼensi, nga bakutte empewo ennya ezʼensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna. Ne ndaba malayika omulala ngʼava ebuvanjuba ngʼakutte akabonero kʼenvumbo aka Katonda omulamu, nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi nʼennyanja nti, “Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, nʼennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero kʼenvumbo ka Katonda akakulu ku byenyi byʼabaweereza ba Katonda waffe.

Awo ne mpulira omuwendo gwʼabo abaateekebwako akabonero kʼenvumbo nga baali emitwalo kkumi nʼena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu bika ekkumi nʼebibiri ebya Isirayiri. Abʼomu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), abʼomu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), abʼomu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), abʼomu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), abʼomu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), abʼomu kika kya Manaase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), abʼomu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), abʼomu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), abʼomu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), abʼomu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), abʼomu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), abʼomu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Abo be baateekebwako akabonero kʼenvumbo.”

Oluvannyuma lwʼebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kyʼabantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina nʼenkindu mu ngalo zaabwe. Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nga bagamba nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe eyʼobwakabaka era bwa Mwana gwʼEndiga.” Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka nʼabakadde era nʼebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ngʼebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda. Ne bayimba nti, “Amiina! Okutenderezebwa, nʼekitiibwa, nʼamagezi, nʼokwebazibwa, nʼettendo, nʼobuyinza, nʼamaanyi, bibe eri Katonda waffe emirembe nʼemirembe. Amiina!” Awo omu ku bakadde nʼambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyeru obamanyi, era omanyi gye bava?” Ne nziramu nti. “Mukama wange, gwʼomanyi.” Nʼaŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gwʼOmwana gwʼEndiga. Kyebavudde babeera wano mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka eya Katonda nga bamusinza emisana nʼekiro mu Yeekaalu ye. Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, anaaberanga nabo ngʼabalabirira. Tebaliddayo kulumwa njala wadde ennyonta, newaakubadde omusana okubookya wadde ekyokya ekirala kyonna; kubanga Omwana gwʼEndiga ayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka, yʼanaabeeranga omusumba waabwe era yʼanaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ezʼamazzi agʼobulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”

Awo Omwana gwʼEndiga bwe yabembulula akabonero kʼenvumbo akʼomusanvu ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu lyonna okumala ngʼekitundu kyʼessaawa. Ne ndaba bamalayika omusanvu abaali bayimiridde mu maaso ga Katonda ne baweebwa amakondeere musanvu. Awo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu nʼajja nʼayimirira okuliraana ekyoto, nʼaweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu nʼokusaba kwʼabatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka. Akaloosa akalungi nʼomukka ebyava mu bubaane obutabuddwamu nʼokusaba kwʼabatukuvu ne kambuka eri Katonda nga kava mu kyoto malayika mwe yabufuka. Malayika nʼaddira ekyoterezo nʼakijjuza omuliro gwʼaggye ku kyoto nʼaguyiwa wansi ku nsi, ne wabaawo okubwatuka, nʼokuwuluguma, nʼokwakaayakana, nʼokumyansa kwʼeggulu era ne wabaawo ne musisi. Awo bamalayika omusanvu abaalina amakondeere omusanvu ne beetegeka okufuuwa amakondeere gaabwe.

Malayika owʼolubereberye nʼafuuwa ekkondeere lye, omuzira nʼomuliro nga byetabudde nʼomusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu ekyʼensi ne kiggya omuliro, bwe kityo nʼekitundu kimu kyakusatu ekyʼemiti ne kiggya omuliro, nʼomuddo gwonna ne guggya.

Malayika owookubiri nʼafuuwa ekkondeere lye, ekintu ekinene ennyo nga kifaanana ngʼolusozi olunene ennyo nga lwonna lwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja. Ekitundu ekimu ekyokusatu ekyennyanja ne kifuuka omusaayi, nʼekimu ekyokusatu ekyʼebitonde ebyʼomu nnyanja ne kifa, nʼekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼamaato ne kizikirira.

Malayika owookusatu nʼafuuwa ekkondeere lye, emmunyeenye ennene eyakaayakana nʼegwa okuva mu ggulu, nʼegwa mu kitundu ekimu ekyokusatu ekyʼemigga nʼensulo zʼamazzi. Emmunyeenye eyo yali eyitibwa “Kukaawa” nʼetteeka obutwa mu kitundu ekimu ekyokusatu ekyʼamazzi gonna, abantu bangi ne bafa.

Malayika owookuna nʼafuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼenjuba nʼekimu ekyokusatu ekyʼomwezi, nʼekimu ekyokusatu ekyʼemmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obwʼemisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, nʼekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, nʼomusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, nʼekizikiza ne kyeyongera bwe kityo. Ne ndaba empungu emu ngʼebuuka mu bbanga ngʼereekaana mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Zibasanze, Zibasanze, Zibasanze abantu abʼoku nsi olwʼebintu ebyʼentiisa ebinaatera okubatuukako kubanga bamalayika abasatu abasigaddeyo banaatera okufuuwa amakondeere gaabwe.”

Awo malayika owookutaano nʼafuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ngʼeva mu ggulu ngʼegwa ku nsi era nʼeweebwa ekisumuluzo ekyʼobunnya obutakoma. Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ngʼoguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olwʼomukka ogwʼomu bunnya. Enzige ne ziva mu mukka ne zikka ku nsi ne ziweebwa obuyinza okuluma ngʼenjaba ezʼobusagwa. Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe. Tezaagambibwa kubatta wabula okubabonyaabonya okumala emyezi etaano nga zibaluma bulumi, ngʼobulumi bwazo buli ngʼobuva mu kubojjebwa enjaba ezʼobusagwa. Mu biro ebyo abantu balyagala okwetta naye tekirisoboka kubanga okufa kuliba kubeesamba; balyegomba okufa naye kwo, nga kubadduka buddusi! Enzige zino zaali zifaanana ngʼembalaasi ezitegekeddwa okugenda ku lutalo okulwana, ne ku mitwe gyazo nga kuli ngʼokutikkiddwa engule za zaabu ate ebyenyi byazo nga biri ngʼebyʼabantu. Obwoya bwazo nga buli ngʼenviiri zʼabakazi, ate go amannyo gaazo gaali ngʼagʼempologoma. Zaali zambadde ebyʼomu bifuba ebiri ngʼebyʼebyuma, nga nʼebiwaawaatiro byazo biwuluguma ngʼeddoboozi lya nnamuziga wʼamagaali, agʼembalaasi ennyingi nga zifubutuka okulaga mu lutalo. Zaalina emikira egibojja ngʼegyʼenjaba ezʼobusagwa. Nʼobuyinza bwazo obwʼokubonyaabonya obwaziweebwa obwʼemyezi etaano bwali mu mikira omwo. Kabaka waazo ye malayika owʼobunnya obutakoma, erinnya lye mu Lwebbulaniya ye Abadoni ate mu Luyonaani ye Apolwoni. Ekyʼentiisa ekisooka ne kiyita, naye ngʼekyaliyo bya mirundi ebiri ebijja!

Awo malayika owʼomukaaga nʼafuuwa ekkondeere lye, ne mpulira eddoboozi nga lyogera okuva mu mayembe ana agali ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda, nga ligamba malayika oyo owʼomukaaga nti, “Sumulula bamalayika abana abaasibirwa ku mugga omunene Fulaati.” Bamalayika abana abaali basibiddwa nga balindirira omwaka nʼomwezi ogwo, nʼolunaku olwo, nʼessaawa eyo, ne basumululwa okutta ekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼabantu. Ne mpulira omuwendo ogwʼeggye eryʼabaserikale nga bali obukadde ebikumi bibiri. Ne ndaba mu kwolesebwa, ngʼembalaasi nʼabaali bazeebagadde nga bambadde ebyʼomu bifuba ebimyufu, era mwalimu nʼabambadde ebya bbululu nʼebya kyenvu. Emitwe gyʼembalaasi gyali gifaanana ngʼegyʼempologoma, ne mu bumwa bwazo ne muvaamu omuliro nʼomukka ne salufa. Ebibonyoobonyo ebyo ebisatu: Omukka nʼomuliro nʼobuganga ebyava mu bumwa bwazo ne bitta ekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼabantu. Amaanyi gaazo agʼokutta tegaali mu bumwa bwazo mwokka, naye gaali ne mu mikira gyazo, kubanga emikira egyo gyali ngʼemitwe gyʼemisota, nga gye zibojjesa. Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lwʼebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni nʼebifaananyi ebyakolebwa nʼemikono ebya zaabu nʼebya ffeeza, nʼebyʼebikomo, nʼebyʼamayinja nʼomuti, ebitalaba yadde okuwulira so nʼokutambula tebitambula. Era tebeenenya butemu bwabwe, wadde obulogo, wadde obwenzi, wadde obubbi bye baakolanga.

Ne ndaba malayika omulala owʼamaanyi ngʼakka okuva mu ggulu nga yeetooloddwa ekire, ngʼayambadde musoke ku mutwe gwe; amaaso ge nga gaakaayakana ngʼenjuba ate ebigere bye nga byaka ngʼomuliro. Yali alina mu ngalo ze omuzingo gwʼekitabo omutono ngʼagwanjuluzza, nʼateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja ate ekya kkono nʼakiteeka ku lukalu. Nʼaleekaana mu ddoboozi eryʼomwanguka nga liri ngʼokuwuluguma kwʼempologoma. Ne wabaawo nʼokubwatuka kwa mirundi musanvu olwʼeddoboozi eryo. Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera, nnali nʼatera okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga ligamba nti, “Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.” Awo malayika gwe nalaba ngʼayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu nʼayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu, nʼalayira Oyo omulamu abeerera emirembe gyonna, eyatonda eggulu nʼebintu byonna ebirimu, nʼatonda nʼensi nʼebintu byonna ebigirimu, nʼatonda nʼennyanja ne byonna ebigirimu, ngʼagamba nti, “Tewaliba kulwa nate. Naye mu nnaku ezʼeddoboozi lya malayika owʼomusanvu, bwʼaliba anaatera okufuuwa ekkondeere, ekyama kya Katonda kiribikkulwa, nga bwe yabuulira abaddu be, bannabbi.”

Eddoboozi lye nawulira nga liva mu ggulu, ne liddamu ne liŋŋamba nti, “Twala omuzingo gwʼekitabo nga mubikkule okuva mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.” Ne ŋŋenda eri malayika ne mugamba ampe omuzingo gwʼekitabo ogwo omutono. Nʼaŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; mu kamwa ko guliwoomerera ngʼomubisi gwʼenjuki, naye guligulumbya olubuto lwo.” Ne nziggya omuzingo ogwo omutono mu mukono gwa malayika ne ngulya, ne gumpomera ngʼomubisi gwʼenjuki, naye bwe nagumira ne gugulumbya olubuto lwange. Ne baŋŋamba nti, “Kikugwanidde okuwa obunnabbi nate ku mawanga, nʼensi, nʼennimi ne bakabaka bangi.”

Ne mpeebwa olumuli oluli ngʼomuggo okupima ne ŋŋambibwa nti, “Golokoka opime Yeekaalu ya Katonda nʼekyoto nʼabo abasinziza mu Yeekaalu. Naye oluggya olwʼebweru lwo tolupima kubanga luweereddwayo eri amawanga, era balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi amakumi ana mu ebiri (42). Era ndiwa abajulirwa bange ababiri nga bambadde ebikutiya ne bawa obunnabbi okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga (1,260).” Abajulirwa abo ababiri gyʼemiti emizeeyituuni ebiri era ettabaaza ebbiri, abayimirira mu maaso ga Mukama owʼensi yonna. Omuntu yenna agezaako okubakolako akabi azikirizibwe nʼomuliro oguva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe; era omuntu yenna bwʼayagala okubakolako akabi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa. Balina obuyinza okuggalawo eggulu enkuba nʼetetonnya mu nnaku ezʼobunnabbi bwabwe, era balina nʼobuyinza okufuula amazzi omusaayi nʼokuleeta buli kubonaabona kwonna ku nsi buli lwe banaabanga baagadde.

Bwe balimala okuwa obujulirwa bwabwe, ensolo enkambwe eva mu bunnya obutakoma erirangirira olutalo ebalwanyise, era ebatte nʼokubawangula ebawangule. Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo zʼekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba; ekibuga ekiyitibwa “Sodomu” mu mwoyo oba ensi eya “Misiri” mu mwoyo Era okumala ennaku ssatu nʼekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu abamu nʼebika, nʼennimi, nʼamawanga mu nguudo zʼekibuga. Tewali nʼomu alikkirizibwa kubaziika. Era walibaawo okusanyuka ku nsi, abantu bonna nga bajaguza nʼokuweerezagana ebirabo, nʼokwekulisa bannabbi abo ababiri abaliba bafudde abaali bababonyaabonya ennyo.

Naye oluvannyuma lwʼennaku essatu nʼekitundu omwoyo gwʼobulamu oguva eri Katonda ne gubayingiramu ne bayimirira. Awo okutya kungi ne kujjira buli muntu yenna eyabalaba. Awo ne bawulira eddoboozi eryʼomwanguka okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mulinnye mujje wano.” Ne balinnya mu kire okugenda mu ggulu ngʼabalabe baabwe babalaba. Mu ssaawa eyo yʼemu ne wabaawo musisi eyasuula ekitundu ekimu ekyʼekkumi ekyʼekibuga, era abantu kasanvu ne bafa. Abaawona baatya nnyo era ne bagulumiza Katonda owʼeggulu. Ekyʼentiisa ekyokubiri ne kiyita, naye ekyokusatu kijja mangu.

Awo malayika owʼomusanvu nʼafuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti, “Obwakabaka bwʼensi eno kati bufuuse bwa Mukama waffe ne Kristo we, era anaafuganga emirembe nʼemirembe.” Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza nga bagamba nti, “Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna, ggwe aliwo kati era eyaliwo, kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo, Era ofuga.” “Amawanga gaakunyiigira, naye kaakano naawe kyʼekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo era kyʼekiseera okusalira abo abaafa omusango, nʼokuwa empeera abaweereza bo bannabbi, nʼabatukuvu bo, nʼabo abatya erinnya lyo abakulu nʼabato, nʼokuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.” Awo Yeekaalu ya Katonda eyʼomu ggulu nʼeggulwawo, nʼessanduuko eyʼendagaano nʼerabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa nʼokubwatuka kwʼeggulu nʼomuzira omungi ogwʼamaanyi era ensi yonna nʼekankanyizibwa musisi owʼamaanyi ennyo.

Ne wabaawo ekyewuunyo ekinene mu ggulu. Ne ndaba omukazi ngʼayambadde enjuba nʼomwezi nga guli wansi wa bigere bye, ngʼalina engule eyaliko emmunyeenye kkumi na bbiri ku mutwe gwe. Yali lubuto era ngʼakaaba ngʼalumwa okuzaala. Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu nʼamayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu. Ku mukira gwʼogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼemmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso gʼomukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa. Omukazi nʼazaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna nʼomuggo ogwʼekyuma, amangwago nʼakwakulibwa nʼatwalibwa eri Katonda ku ntebe ye eyʼobwakabaka. Omukazi nʼaddukira mu ddungu eyali ekifo Katonda gye yategeka okumulabirira okumala ennaku Lukumi mu bibiri mu nkaaga.

Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika abʼomu kibinja kye ne balwanyisa ogusota nʼeggye lya bamalayika baagwo. Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu. Ogusota ogwo ogwʼamaanyi, era gwe gusota ogwʼedda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi nʼeggye lyagwo lyonna. Ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka mu ggulu nga ligamba nti, “Kaakano obulokozi bwa Katonda, nʼamaanyi ge nʼobwakabaka bwa Katonda waffe awamu nʼobuyinza bwa Kristo we bizze. Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe, eri Katonda waffe emisana nʼekiro, agobeddwa mu ggulu. Ne bamuwangula olwʼomusaayi gwʼOmwana gwʼEndiga, nʼolwʼekigambo ekyʼobujulirwa bwabwe, ne bawaayo obulamu bwabwe nga tebatya na kufa. Noolwekyo ssanyuka ggwe eggulu, nammwe abalituulamu musanyuke. Naye mmwe ensi nʼennyanja zibasanze, kubanga Setaani asse gye muli ngʼalina obusungu bungi, ngʼamanyi nti asigazza akaseera katono.”

Awo ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi ne guyigganya omukazi eyazaala omwana owoobulenzi. Naye omukazi nʼaweebwa ebiwaawaatiro bibiri ebinene ngʼebyʼempungu okubuuka agende mu ddungu mu kifo ekyamuteekerwateekerwa, gyʼalabiririrwa era gyʼakuumibwa, ogusota ne gutamukola kabi okumala ekiseera nʼekitundu kyʼekiseera. Ogusota ne guwandula amazzi mangi okuva mu kamwa kaagwo ne ganjaala ne gafuuka omugga nga galaga omukazi gye yali, nga gafuba okumuzikiriza. Naye ettaka ne liyamba omukazi bwe lyayasama ne limira omugga ogwo ogwayanjaala. Awo ogusota, nga gwonna gujjudde obusungu bungi, ne gugenda okulumba abaana bʼomukazi abalala, abo bonna abaali bakwata amateeka ga Katonda era nga bajulira Yesu. Ne guyimirira ku lubalama lwʼennyanja.

Awo ne ndaba ekisolo ekikambwe nga kiva mu nnyanja, nga kirina emitwe musanvu nʼamayembe kkumi era nga kirina engule kkumi ku mayembe gaakyo, era ku buli mutwe nga kuwandiikiddwako amannya agavvoola Katonda. Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ngʼengo naye ngʼebigere byakyo biri ngʼebyʼeddubu, kyokka ngʼakamwa kaakyo kali ngʼakʼempologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo awamu nʼentebe yaakyo eyʼobufuzi era nʼobuyinza bungi. Awo ogumu ku mitwe gyagwo gwali gufumitiddwa nga gufunye ekiwundu ekyali kigenda okugutta, naye ekiwundu ekyali kigenda okugutta ne kiwona. Ensi yonna ne yeewuunya era abantu ne bagoberera ekisolo ekyo. Ne basinza ogusota olwʼokuwa ekisolo ekikambwe obuyinza obwenkaniddaawo, era nʼekisolo ne bakisinza, nga bagamba nti, “Ani akisinga amaanyi era ani ayinza okulwana nakyo?” Awo ekisolo ne kikkirizibwa okwogera ebintu ebyʼokwegulumiza nʼebyʼobuvvoozi era ne kiweebwa nʼobuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri. Ekisolo ne kitandika okuvvoola Katonda nʼobutayogera birungi ku linnya lye, ne ku kifo kye mwʼabeera, ne kivuma nʼabo ababeera mu ggulu.

Ne kiweebwa obuyinza okulwanyisa abatukuvu nʼokubawangula era nʼokufuga buli kika, na buli ggwanga, na buli lulimi, na buli nsi. Era abantu bonna abaaliwo okuva ku kutondebwa kwʼensi, abatawandiikiddwa mu kitabo ekyʼObulamu ekyʼOmwana gwʼEndiga eyattibwa balisinza ekisolo ekyo. Alina amatu awulire. Buli owʼokutwalibwa mu busibe wa kusiba. Era buli owʼokuttibwa nʼekitala, wa kuttibwa na kitala. Kubanga awo okugumiikiriza nʼokukkiriza kwʼabatukuvu we kutegeererwa.

Awo ne ndyoka ndaba ekisolo ekikambwe ekirala nga kiva mu ttaka, nga kirina amayembe abiri agali ngʼagʼakaliga akato naye ngʼeddoboozi lyakyo liri ngʼeryʼogusota. Ekisolo ekyo ne kikozesa obuyinza obwa kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu ekyawonyezebwa era ekyasinzibwa ensi yonna. Ne kikola ebyamagero ebyewuunyisa, gamba ngʼokuwandula ennimi ezʼomuliro ku nsi nga ziva mu bbanga nga buli omu alaba. Olwʼokuweebwa obuyinza okukola ebyamagero ebyo mu linnya lyʼekisolo kiri ekyasooka, abantu bangi baalimbibwalimbibwa. Ekisolo ekyo ne kiragira abantu abʼoku nsi okukola ekifaananyi ekyʼekisolo kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu ekyʼekitala ekyawona. Ekisolo ekyo ne kiweebwa okufuuwa omukka ogwʼobulamu mu kifaananyi kyʼekisolo ekyo kyogere, era ekifaananyi ekyo ne kittisa abantu bangi abaagaana okukisinza.

Awo ekisolo ne kiragira bonna, abakulu nʼabato, abagagga nʼabaavu, abʼeddembe nʼabaddu, bateekebweko akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi, nga tewali nʼomu akkirizibwa okugula oba okutunda ekintu kyonna, nga talina kabonero akʼerinnya lyʼekisolo ekyo oba ennamba yaakyo. Ekyo kyetaaga amagezi: abo abasobola okutegeera amakulu gʼomuwendo guno babale ennamba eri ku kisolo kubanga gwe muwendo gwʼomuntu. Omuwendo ogwo guli lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.

Awo ne ndaba Omwana gwʼEndiga ngʼayimiridde ku lusozi Sayuuni, ngʼali nʼabantu emitwalo kkumi nʼena mu enkumi nnya (144,000), ngʼerinnya lye nʼerya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi byʼabantu abo. Ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga liyira ngʼekiyiriro ekyʼamazzi amangi nʼokubwatuka kwʼeggulu kwali kwʼamaanyi nnyo. Eddoboozi eryo lyali ngʼokuyimba okwʼabayimbi nga bakuba nʼennanga zaabwe. Ne bayimba oluyimba olwali ngʼoluyimba oluggya olulungi ennyo mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka eya Katonda ne mu maaso gʼebiramu ebina nʼabakadde. Ne wataba muntu nʼomu eyasobola okuyiga oluyimba olwo okuggyako abo emitwalo ekkumi nʼena mu enkumi ennya, abaanunulibwa okuva mu nsi. Abo be bantu abateeyonoonesanga eri abakazi; be bagoberera Omwana gwʼEndiga buli gyʼalaga. Baanunulibwa mu bantu abʼomu nsi ne beewaayo ngʼebibala ebibereberye eri Katonda nʼeri Omwana gwʼEndiga. Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa.

Awo ne ndaba malayika omulala ngʼabuukira mu bbanga ngʼalina Enjiri eyʼemirembe nʼemirembe eyʼokubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi nʼabantu. Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja, nʼensulo zʼamazzi zonna.” Ate malayika omulala owookubiri nʼamugoberera ngʼagamba nti, “Babulooni kigudde! Kigudde, ekibuga ekikulu, kubanga kyasendasenda amawanga gonna okunywa ku mwenge gwʼobusungu obwʼobwenzi bwakyo.”

Ne malayika omulala owookusatu nʼabagoberera ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo nʼekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo, oyo alinywa ku mwenge gwʼobusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe ekyʼobusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa nʼomuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga. Omukka gwʼokubonaabona kwabwe gunyooka emirembe nʼemirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana nʼekiro abo abaasinza ekisolo nʼekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza nʼokuteekebwako akabonero akʼerinnya lyakyo. Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa.”

Awo ne mpulira eddoboozi nga liva mu ggulu nga ligamba nti, “Wandiika kino nti Okuva kaakano, balina omukisa abafu, abafiira mu Mukama waffe. Balina omukisa ddala,” bwʼayogera Omwoyo. Banaawummula okutegana kwabwe, kubanga ebikolwa byabwe bibagoberera.

Ne ndaba, era laba, ekire ekyeru era nga kiriko akituddeko eyali afaanana ngʼOmwana wʼOmuntu eyalina engule eya zaabu ku mutwe gwe era ngʼakutte ekiwabyo ekyogi mu mukono gwe. Awo malayika omulala nʼava mu Yeekaalu, nʼamugamba mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Tandika okukozesa ekiwabyo kyo okukungula, kubanga ekiseera kituuse era nʼebyokukungula ku nsi byengedde.” Bwʼatyo eyali atudde ku kire nʼawuuba ekiwabyo kye era nʼakungula ensi.

Awo malayika omulala nʼava mu Yeekaalu eyʼomu ggulu era naye ngʼalina ekiwabyo ekyogi. Malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba eyalina ekiwabyo ekyogi nti, “Kozesa ekiwabyo kyo osale ebirimba byʼemizabbibu egyʼoku nsi, kubanga gyengedde.” Bwʼatyo malayika nʼawuuba ekiwabyo ekyogi ku nsi, nʼakuŋŋaanyiza ebibala ebyo mu ssogolero lyʼobusungu bwa Katonda. Emizabbibu egyo ne gisogolerwa ebweru wʼekibuga era omugga gwʼomusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo ne buba ngʼokutuuka ku kyuma kyʼomu kamwa kʼembalaasi, ate obuwanvu bwagwo ne guweza nga kilomita ebikumi bisatu (300).

Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akʼamaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire.

Awo ne ndaba ekifaanana ngʼennyanja etangalijja ngʼeri ngʼendabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo nʼekifaananyi kyakyo awamu nʼakabonero akʼomuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa. Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, nʼoluyimba lwʼOmwana gwʼEndiga nga lugamba nti, “Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna. Amakubo go matukuvu era ga mazima, ayi ggwe Kabaka wa mawanga. Ani ataakutye Ayi Mukama, nʼatagulumiza linnya lyo? Ggwe wekka gwe Mutukuvu, amawanga gonna galijja ne gasinziza mu maaso go, Kubanga ebikolwa byo ebyʼobutuukirivu birabise.”

Oluvannyuma lwʼebyo, ne ndaba Yeekaalu ngʼeggaddwawo, lye kkuŋŋaaniro lyʼobujulirwa mu ggulu. Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu. Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe nʼemirembe. Awo Yeekaalu nʼejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda nʼemu maanyi ge, so tewaali muntu nʼomu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.

Awo ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka okuva mu Yeekaalu nga ligamba bamalayika omusanvu nti, “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu ebirimu ekiruyi kya Katonda.”

Malayika eyasooka nʼava mu Yeekaalu nʼayiwa ekibya kye ku nsi. Awo amabwa amazibu ne gajja ne gakwata buli muntu eyalina akabonero kʼekisolo na buli eyasinzanga ekifaananyi kyakyo.

Malayika owookubiri nʼayiwa ekibya kye ku nnyanja, amazzi ne gafuuka ngʼomusaayi gwʼomuntu amaze ekiseera ekitono ngʼafudde. Ebiramu byonna ebyali mu nnyanja ne bifa.

Malayika owookusatu nʼayiwa ekibya kye ku migga ne ku nsulo zʼamazzi, byonna ne bifuuka ngʼomusaayi. Ne mpulira malayika eyakola ku mazzi ngʼayogera nti, “Oli mutuukirivu, Ayi ggwe Omutukuvu, aliwo era eyaliwo, kubanga bwʼotyo bwe wasala omusango. Olwʼokubanga baayiwa omusaayi gwʼabatukuvu ne bannabbi, ogwo gwe musaayi gwʼobawadde okunywa.” Awo ne mpulira ekyoto ngʼakyogera nti, “Weewaawo Mukama Katonda Ayinzabyonna, ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.”

Awo malayika owookuna nʼayiwa ekibya kye ku njuba, nʼevaamu omuliro ne gwokya abantu. Abantu ne bookebwa omuliro ogwagivaamu ne bavvoola erinnya lya Katonda Omuyinza wʼebibonyoobonyo ebyo, ne bateenenya okukyuka okuliwa ekitiibwa.

Awo malayika owookutaano nʼayiwa ekibya kye ku ntebe eyʼobufuzi bwʼekisolo, obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza. Nʼabo be kifuga nabo obulumi ne bubalumya obujiji, ne bavvoola Katonda owʼeggulu olwʼobulumi bwe baalimu, nʼamabwa agaali gabaluma, naye ne bateenenya bikolwa byabwe ebibi.

Awo malayika owʼomukaaga nʼayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati ne gukalira, bakabaka abʼebuvanjuba basobole okuyisaawo amaggye gaabwe.

Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ngʼebikere nga giva mu kamwa kʼogusota, nʼakʼekisolo, nʼaka nnabbi owʼobulimba. Abo be baddayimooni abakozi bʼebyamagero abateesa nʼabafuzi bonna abʼoku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olwʼolutalo. “Laba, nzija ngʼomubbi! Alina omukisa oyo alindirira nʼakuuma ekyambalo kye nga kiyonjo, era taliyita bwereere, si ku lwa ngʼaswala.” Emyoyo egyo ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa Magedoni mu Lwebbulaniya.

Awo malayika owʼomusanvu nʼayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi eryʼomwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe yʼobwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.” Awo ne walabika okumyansa kwʼeggulu nʼokubwatuka ne musisi owʼentiisa atabangawo ku nsi. Ekibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, nʼebibuga byʼamawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe kyʼomwenge ekyʼobukambwe bwʼekiruyi kya Katonda. Buli kizinga ne kidduka era tewaali lusozi na lumu olwalabikako. Nʼomuzira ogwʼamaanyi ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ngʼobuzito bwayo buwera nga kilo amakumi ataano malamba ne gukuba abantu. Abantu ne bakolimira Katonda olwʼekibonyoobonyo ekyo ekyʼokukubibwa omuzira ogwʼamaanyi era omuzito bwe gutyo.

Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu nʼajja nʼayogera nange, nʼaŋŋamba nti, “Jjangu nkulage ebigenda okutuuka ku mukazi malaaya omukulu atudde ku mazzi amangi. Bakabaka abʼoku nsi bayenda naye nʼabantu abʼoku nsi banywa omwenge ogwʼobwenzi bwe ne batamiira.” Bwʼatyo malayika nʼantwala mu mwoyo, mu ddungu, ne ndaba omukazi ngʼatudde ku kisolo ekimyufu ekyalina emitwe omusanvu nʼamayembe ekkumi, okwali kuwandiikiddwa amannya agavvoola Katonda. Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu nʼolwa kakobe era ngʼalina nʼebintu ebirala ebyʼomuwendo, nga zaabu nʼamayinja agʼomuwendo, era ngʼakutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde ebyʼomuzizo byonna ebyʼobwenzi bwe. Ebiwandiiko ebyʼekyama byali biwandiikiddwa ku kyenyi kye nga bigamba nti, “BABULOONI EKIBUGA EKIKULU. NNYINA WA BAMALAAYA BONNA, ERA NNYINA WʼEBYʼEMIZIZO MU NSI.” Ne ndaba omukazi ngʼatamidde omusaayi gwʼabatukuvu, awamu nʼogwʼabajulirwa abattibwa olwa Yesu. Bwe namulaba ne neewuunya. Malayika nʼambuuza nti, “Lwaki weewuunya? Nzija kukunnyonnyola ebyama ebyʼomukazi oyo era nʼekisolo kwʼatudde ekirina emitwe omusanvu nʼamayembe ekkumi.

Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo ekyʼObulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo. “Kale kyetaaga amagezi nʼokutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu omukazi kwʼatudde, era be bakabaka omusanvu. Abataano baagwa, omu yʼaliwo kaakano, naye omulala tannajja wabula bwʼanajja kimugwanira okubeerawo ekiseera kitono. Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, kyʼekyʼomunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa. “Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu nʼekisolo okumala essaawa emu. Bonna bassa kimu era baliwa ekisolo ekikambwe, amaanyi nʼobuyinza bwabwe.

Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gwʼEndiga, kyokka Omwana gwʼEndiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.” Awo malayika nʼaŋŋamba nti, “Amazzi ge walaba omukazi omwenzi kwʼatudde, be bantu nʼebibinja byʼabantu aba buli kika nʼaba buli lulimi. Ekisolo nʼamayembe ekkumi bye walaba birikyawa omukazi oyo ne bimulumba ne bimulwanyisa, era birimuleka bwereere nga talina kyʼayambadde ne birya omubiri gwe, ne bimwokya nʼomuliro. Kubanga Katonda ye yakibiwa bituukirize ebyo bye yasiima okukola, nʼokukola nʼomwoyo gumu nʼokuwa obwakabaka bwabwe ekisolo ekyo okutuusa ekigambo kya Katonda lwe kirituukirira. Ate omukazi gwe walabye, kyʼekibuga ekikulu ekifuga bakabaka bonna abʼoku nsi.”

Oluvannyuma lwʼebyo ne ndaba malayika omulala ngʼakka okuva mu ggulu nʼobuyinza obungi ennyo era ensi nʼeyakaayakana olwʼekitiibwa kye yalina. Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde! Kifuuse empuku ya baddayimooni, nʼekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu, nʼekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu, nʼekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa. Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gwʼobwenzi bwe. Bakabaka abʼomu nsi bonna baayenda naye. Era abasuubuzi abʼomu nsi yonna bagaggawadde olwʼobulamu bwe obwʼokwejalabya.”

Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo muleme kwegatta mu bibi bye, muleme kubonerezebwa wamu naye. Kubanga ebibi bye bingi nnyo, era bituuse ne mu ggulu, era Katonda ajjukira obutali butuukirivu bwe. Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala; mumubonereze emirundi ebiri olwʼebikolwa bye ebibi. Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala. Nga bwe yeegulumiza ne yeejalabya, bwʼotyo bwʼoba omubonereza era omunakuwaze, kubanga ayogera mu mutima gwe nti, ‘Ntudde nga kabaka omukazi, siri nnamwandu, era sirina nnaku.’ Noolwekyo ebibonyoobonyo ebyʼokufa nʼokukaaba nʼenjala birimujjira mu lunaku lumu, era alizikirizibwa nʼomuliro; kubanga Mukama Katonda amusalidde omusango.”

“Bakabaka abʼomu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mwʼalyokerwa. Baliyimirira wala nga bakankana olwʼokutya era nga boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, ‘Zikisanze, Zikisanze Babulooni ekibuga ekyo ekikulu! Ekibuga ekyʼamaanyi, Kubanga mu ssaawa emu omusango gwakyo gusaliddwa.’ ” “Abasuubuzi bʼomu nsi balimukaabira nga bamukungubagira kubanga nga tewakyali abagulako byamaguzi byabwe. Ebyamaguzi ebya zaabu, nʼebya ffeeza, nʼebyʼamayinja agʼomuwendo, ne luulu, nʼebyʼengoye eza linena, nʼeza kakobe, nʼeza liiri, nʼemyufu era na buli muti gwonna ogwa kaloosa, nʼebintu ebyʼamasanga, na buli kika ekyʼemiti egyʼomuwendo ennyo, nʼebikomo, nʼebyuma awamu nʼamayinja aga mabbo; nʼebyakaloosa, nʼebinzaali, nʼobubaane, nʼomuzigo gwʼomugavu, ne wayini, nʼamafuta, nʼobuwunga bwʼeŋŋaano obulungi; nʼente, nʼendiga; nʼembalaasi, nʼamagaali; nʼabaddu nʼemyoyo gyabwe. “Ekibala emmeeme yo kye yeegombanga, tekyakirina, byonna ebyʼomuwendo omungi nʼebyʼokwejalabya tebikyali bibyo. Bikuvuddeko byonna so toliddayo kubirabako nate emirembe gyonna.” Bwe batyo abasuubuzi abaagaggawala olwʼokubaguza ebintu bino, baliyimirira wala nga nabo batya, olwʼokutya okubonaabona kwe, nʼokukaaba kwe, nʼokunakuwala kwe, nga bagamba nti, “Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu, ekifaanana ngʼomukazi ayambadde engoye eza linena omulungi, nʼeza kakobe, nʼemyufu, era ngʼataddemu ebyʼomu bulago ebya zaabu nʼamayinja agʼomuwendo omungi ne luulu. Mu ssaawa emu obugagga obwenkanaawo bwonna buzikiridde!” “Era abo bonna abalina emmeeri ezʼebyʼobusuubuzi awamu nʼabagoba baazo, nʼabo abazikolamu, baayimirira wala. Bakaaba nga balaba omukka oguva mu muliro ogumwokya, nga gwambuka, nga bwe bagamba nti, ‘Ekibuga ekiri nga kino kirirabika wa nate?’ Ne beeyiyira enfuufu ku mitwe gyabwe nga banakuwadde era nga bakaaba nga boogera nti, ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu! Kyabagaggawaza bonna abaalina ebyombo ku lubalama lwʼennyanja olwʼobugagga obwakirimu, naye kaakano mu ssaawa emu byonna ebyakirimu bizikiridde. Kyokka ggwe eggulu ssanyuka olwʼokubonerezebwa kwe, nammwe abatukuvu ne bannabbi nʼabatume musanyuke. Kubanga Katonda amusalidde omusango ku lwammwe.’ ” Awo malayika omu owʼamaanyi nʼasitula ejjinja eddene eriri ngʼolubengo nʼalisuula mu nnyanja nga bwʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Bwe kityo Babulooni, ekibuga ekikulu bwe kirisuulibwa wansi nʼamaanyi, era tekiriddayo kulabika nate emirembe gyonna. Mu ggwe temuliwulirwa nate ddoboozi lya bayimbi, nʼabakubi bʼennanga nʼeryʼabafuuyi bʼendere, nʼeryʼabafuuyi bʼeŋŋombe. Mu ggwe temulisangibwamu muweesi wadde okuweesa okwʼengeri yonna, newaakubadde okuvuga kwʼolubengo nga basa tekuliwulirwa mu ggwe.

Ekitangaala kyʼettaala ngʼeyaka tekirirabikira mu ggwe nate, kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna, era walimbalimba amawanga gonna nʼebyʼobulogo bwo. Era mu Babulooni mwasangibwamu omusaayi gwʼabatukuvu nʼogwa bannabbi, nʼabo bonna abattibwa ku nsi.”

Oluvannyuma lwʼebyo ne mpulira oluyoogaano lwʼabantu abangi mu ggulu nga bagamba nti, “Aleruuya! Obulokozi nʼekitiibwa nʼamaanyi bya Katonda waffe. Kubanga ensala ye eyʼemisango ya mazima era ya butuukirivu. Yabonereza malaaya omukulu eyayonoona ensi nʼobwenzi bwe. Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olwʼomusaayi gwʼabaweereza be.” Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Aleruuya! Omukka ogwʼokwokebwa kwe nʼomuliro, gunyooka emirembe nʼemirembe!” Awo ebiramu ebina nʼabakadde amakumi abiri mu abana ne basinza Katonda eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, nga bagamba nti, “Amiina. Aleruuya.” Awo eddoboozi ne liva mu ntebe eyʼobwakabaka nga ligamba nti: “Mumutendereze Katonda waffe, mmwe abaddu be mwenna abamutya abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa.” Ate ne mpulira oluyoogaano lwʼabantu abangi olwawulikika ngʼamayengo agʼennyanja ennene, oba ngʼeddoboozi eryʼokubwatuka, ne boogera nti, “Aleruuya, kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna yʼafuga.

Ka tusanyuke, tujaguze, era tumugulumize, kubanga ekiseera kituuse ekyʼembaga eyʼobugole eyʼOmwana gwʼEndiga, era nʼomugole we yeeteeseteese. Omugole nʼayambazibwa olugoye olwa linena omulungi ennyo, olunekaaneka era olusingayo okutukula.” (Linena omulungi ennyo bye bikolwa ebyʼobutuukirivu ebyʼabatukuvu.) Malayika nʼaŋŋamba nti, “Wandiika nti Balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo kyʼembaga eyʼobugole eyʼOmwana gwʼEndiga.” Nʼayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.” Ne ndyoka ngwa wansi ku bigere bye okumusinza naye ye nʼaŋŋamba nti, “Tokikola! Kubanga nange ndi muddu wa Katonda nga ggwe era ngʼabooluganda abalala abanywerera ku ebyo Yesu bye yatumanyisa! Ssinza Katonda. Okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gwʼobunnabbi.”

Ne ndaba eggulu nga libikkuse era laba embalaasi enjeru ngʼagyebagadde ayitibwa Omwesigwa era Owʼamazima, asala omusango mu butuukirivu era mulwanyi wa kitalo mu ntalo. Amaaso ge gaali ngʼolulimi lwʼomuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ngʼalina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga yʼalimanyi. Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ngʼerinnya lye ye Kigambo wa Katonda. Abʼeggye eryʼomu ggulu abaali bambadde engoye eza linena omulungi ennyo enjeru, nabo ne bamugoberera nga beebagadde embalaasi enjeru. Mu kamwa ke mwavaamu ekitala ekyʼobwogi ekyʼokutemesa amawanga. “Alibafuga nʼomuggo ogwʼekyuma.” Alirinnya ku ssogolero lyʼomwenge ogwʼobusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna. Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti: “KABAKA WA BAKABAKA ERA MUKAMA WA BAKAMA.”

Awo ne ndaba malayika omu ngʼayimiridde mu njuba ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu, mulye ennyama yʼemirambo gya bakabaka, abakulu bʼamaggye nʼabasajja abʼamaanyi, nʼegyʼembalaasi nʼegyʼabo abazeebagala, era nʼegyʼabantu bonna abaddu nʼabʼeddembe, abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa.”

Awo ne ndyoka ndaba ekisolo nʼabafuzi abʼomu nsi nʼamaggye gaabwe nga bakuŋŋaanye balwanyise oyo eyali yeebagadde embalaasi, awamu nʼeggye lye. Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi owʼobulimba eyakolanga ebyamagero ngʼekisolo kiraba; bye yakola ngʼalimbalimba abo abakkiriza akabonero kʼekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi owʼobulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja eyʼomuliro eyaka ne salufa. Abaasigalawo ne battibwa nʼobwogi bwʼekitala ekyava mu kamwa kʼoyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ezʼomu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.

Awo ne ndaba malayika ngʼakka okuva mu ggulu ngʼalina ekisumuluzo ekyʼobunnya obutakoma era ngʼalina olujegere oluzito mu mukono gwe. Nʼakwata ogusota guli ogwʼedda, ye Setaani, nʼagusiba mu lujegere gumale emyaka lukumi, nʼagusuula mu bunnya obutakoma era nʼagusibiramu nʼateekako nʼenvumbo guleme kulimbalimba mawanga nate okutuusa ngʼemyaka olukumi giweddeko. Bwe giriggwaako, Setaani ngʼasumululwa okumala akaseera katono.

Awo ne ndaba entebe ezʼobwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gyʼabo abaatemebwako emitwe olwʼokunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi. Naye abafu abalala tebaazuukira okutuusa ngʼemyaka olukumi giweddeko. Kuno kwe kuzuukira okusooka. Balina omukisa era batukuvu abalizuukirira mu kuzuukira okusooka. Kubanga okufa okwokubiri tekuliba na maanyi ku bo, balibeera bakabona ba Katonda ne Kristo era balifugira wamu ne Kristo okumala emyaka egyo olukumi.

Awo emyaka olukumi bwe giriggwaako, Setaani aliteebwa okuva mu kkomera lye. Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga agʼomu nsonda ennya ezʼensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye eryʼokulwana eritasoboka na kubalika nga liri ngʼomusenyu ogwʼoku lubalama lwʼennyanja. Ne bambuka basale olusenyi olunene olwʼensi balyoke bazingize abatukuvu okuva ku buli luuyi lwʼekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro ne guva mu ggulu ne gubookya era ne gubamalawo.

Awo Setaani eyabalimbalimba nʼasuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro eyaka ne salufa, omuli ekisolo ne nnabbi owʼobulimba era banaabonyaabonyezebwanga emisana nʼekiro emirembe nʼemirembe.

Awo ne ndaba entebe eyʼobwakabaka enjeru nʼOyo eyali agituddeko. Ensi nʼebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. Ne ndaba abafu abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, nʼekitabo ekirala kyʼekitabo ekyʼobulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ngʼebikolwa bye bwe byali. Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, nʼokufa nʼAmagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu nʼasalirwa omusango, ngʼebikolwa bye bwe byali. Okufa nʼAmagombe ne bisuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro, kuno kwe kufa okwokubiri. Era buli eyasangibwa ngʼerinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo ekyʼobulamu, nʼasuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro.

Awo ne ndaba eggulu eriggya nʼensi empya. Eggulu eryasooka nʼensi eyasooka byali biweddewo nga nʼennyanja tekyaliwo. Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ngʼomugole bwʼabeera ku mbaga eyʼobugole bwe, ngʼayonjereddwa bbaawe.

Ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka nga lyogera okuva mu ntebe eyʼobwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.” Oyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka nʼagamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era nʼaŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!” Nʼaŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ezʼamazzi amalamu, agʼobuwa. Buli awangula alifuna ebyo byonna ngʼomugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange. Naye abo ababi nʼabatakkiriza nʼabagwagwa, nʼabassi, nʼabenzi, nʼabalogo nʼabasinza ebifaananyi, nʼabalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja eyʼomuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.” Awo omu ku bamalayika omusanvu abaali bamaze okuyiwa ebibya ebyalimu ebibonoobono omusanvu ebyʼenkomerero nʼajja nʼaŋŋamba nti, “Jjangu nkulage omugole wʼOmwana gwʼEndiga.”

Nʼantwala ku ntikko yʼolusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; nʼandaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kyonna kijjudde ekitiibwa kya Katonda era nga kimasamasa ngʼejjinja eryʼomuwendo omungi, erya yasepi, eritangalijja. Bbugwe waakyo yali mugazi era nga mugulumivu, ngʼaliko emiryango kkumi nʼebiri era nga gikuumibwa bamalayika kkumi na babiri, nʼamannya gʼebika ekkumi nʼebibiri ebya Isirayiri nga gawandiikibbwa ku miryango egyo. Ku luuyi olwʼebuvanjuba kwaliko emiryango esatu, ne ku luuyi olwʼobukiikakkono nga kuliko emiryango esatu, ne ku luuyi olwʼobukiikaddyo nga kuliko emiryango esatu, era ne ku luuyi olwʼobugwanjuba nga kuliko emiryango esatu. Bbugwe yaliko amayinja agʼomusingi kkumi nʼabiri agʼabatume bʼOmwana gwʼEndiga. Malayika eyali ayogera nange yali akutte mu mukono gwe omuggo ogwa zaabu ogupimisibwa, apime ekibuga, emiryango gyakyo era ne bbugwe waakyo. Ekibuga kyali kyenkanankana enjuuyi zonna, nʼobuwanvu nabwo nga bwenkana nʼobugazi awamu nʼobukiika. Byonna byali bipima kilomita enkumi bbiri mu ebikumi bina, buli kimu nga kyenkanankana ne kinnaakyo. Ate nʼapima ne bbugwe waakyo ne kiweza mita nkaaga mu mukaaga ngʼekipimo kyʼomuntu bwe kiri ngʼapimye, awamu nʼekyʼabamalayika. Bbugwe waakyo yali azimbiddwa nʼamayinja agayesipi nga nʼekibuga kya zaabu omulongoose nga kitangalijja ngʼendabirwamu ennungi. Emisingi gya bbugwe wʼekibuga nga giyooyooteddwa nʼamayinja agʼomuwendo omungi ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa nʼamayinja aga yasepi, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kalukedoni, ogwokuna aga nnawandagala, ogwokutaano aga sadonukisi, ogwʼomukaaga sadiyo, ogwʼomusanvu aga kerusoliso, ogwʼomunaana aga berulo, ogwʼomwenda aga topazi, ogwʼekkumi aga kerusoperaso, ogwʼekkumi nʼogumu aga kuwakinso, nʼogwʼekkumi nʼebiri aga amesusito. Ate emiryango ekkumi nʼebiri gyakolebwa nʼamayinja agʼomuwendo aga luulu ennungi kkumi nʼabiri, nga buli mulyango gukoleddwa nʼejjinja lya luulu limu. Ate lwo oluguudo olunene olwʼekibuga lwali lwa zaabu ennungi etangalijja ngʼendabirwamu.

Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu nʼOmwana gwʼEndiga, bo ye yeekaalu yaakyo. Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gwʼEndiga ye ttaala yaakyo. Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga agʼomu nsi, era abafuzi abʼomu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa. Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro. Kirifuna ekitiibwa nʼettendo ebyʼamawanga. Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo ekyʼobulamu ekyʼOmwana gwʼEndiga.

“Laba, nzija mangu nsasule buli omu ngʼebikolwa bye bwe biri.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net