Awo oluvannyuma lwʼebyo, Katonda nʼagezesa Ibulayimu, nʼamuyita nti, “Ibulayimu!” Nʼaddamu nti, “Nze nzuuno.” Katonda nʼamugamba nti, “Twala mutabani wo, mutabani wo omu yekka, Isaaka, gwʼoyagala, ogende mu nsi Moliya ku lumu ku nsozi lwe ndikulaga omuweereyo eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa.” Ibulayimu nʼagolokoka ku makya nʼateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, nʼatwala babiri ku baweereza be abasajja ne Isaaka mutabani we, nʼayasa enku ezʼekiweebwayo ekyokebwa, nʼasituka nʼagenda mu kifo Katonda kye yamugamba. Ku lunaku olwokusatu Ibulayimu nʼayimusa amaaso ge nʼalengera ekifo. Awo Ibulayimu nʼagamba balenzi be nti, “Musigale wano nʼendogoyi, nze nʼomulenzi tugende eri tusinze, tulyoke tukomewo.” Ibulayimu nʼaddira enku ezʼekiweebwayo ekyokebwa nʼazitikka Isaaka mutabani we, ye nʼakwata omuliro nʼakambe, ne bagenda bombi. Isaaka nʼagamba Ibulayimu nti, “Taata.” Ibulayimu nʼamuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.” Isaaka nʼamubuuza nti, “Laba, omuliro nʼenku biibino, naye omwana gwʼendiga ogwʼekiweebwayo ekyokebwa guluwa?” Ibulayimu nʼamuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gwʼendiga ogwʼekiweebwayo ekyokebwa.” Kale ne bagenda bombi. Bwe baatuuka mu kifo Katonda kye yamugamba, Ibulayimu nʼazimba ekyoto, nʼatindikira enku, nʼasiba omwana we Isaaka, nʼamuteeka ku kyoto ku nku. Awo Ibulayimu nʼakwata ekiso, nʼagolola omukono gwe atte omwana we. Naye malayika wa Mukama nʼamukoowoola ngʼasinziira mu ggulu, nʼagamba nti, “Ibulayimu! Ibulayimu!” Ibulayimu nʼaddamu nti, “Nze nzuuno.” Nʼamugamba nti, “Togolola mukono gwo ku mulenzi so tomukola kintu na kimu, kubanga kaakano ntegedde nti otya Katonda, ndabye nti omwana wo tomunnyimye, omwana wo omu yekka bwʼati.” Awo Ibulayimu nʼayimusa amaaso, nʼalaba, era laba, emabega we endiga ennume ngʼeri mu kisaka ngʼamayembe gaayo mwe galaalidde. Ibulayimu nʼagenda nʼaddira endiga eyo nʼagiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo kyʼomwana we.