22 – Ebyamagero

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Ebyamagero.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri, ne bajja gyʼali nʼabawa obuyinza okugobanga baddayimooni, nʼokuwonyanga buli ndwadde nʼokukozimba ebya buli ngeri.

Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Mukkiririze mu Katonda. Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, ‘Situka ogwe mu nnyanja,’ nʼatabuusabuusa mu mutima gwe, naye nʼaba nʼokukkiriza, kyʼayogedde kirituukirira. Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli.

Abatume ne baba nʼomwoyo gumu ne bakuŋŋaananga mu kisasi kya Sulemaani, ne bakola ebyamagero bingi mu bantu. So ne wataba nʼomu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, newaakubadde ngʼabantu bonna baabasiima nnyo. Abakkiriza bangi abasajja nʼabakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe. Abantu ne baleeta abalwadde baabwe ku nguudo zʼomu kibuga, ne babagalamizanga ku butanda ne ku bikeeka, ekisiikirize kya Peetero kibatuukeko ngʼazze. Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde nʼabaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 266 ebitundu

Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu nʼensi. Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, nʼOmwoyo wa Katonda ngʼatambulira ku mazzi. Awo Katonda nʼagamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu.

Mukama Katonda nʼakola omuntu okuva mu nfuufu eyʼoku nsi nʼamufuuwa mu nnyindo omukka ogwʼobulamu. Omuntu nʼaba omulamu.

Falaawo nʼagamba Yusufu nti, “Naloose ekirooto, naye tewali nʼomu ayinza kukivvuunula.” Yusufu nʼaddamu Falaawo nti, “Si nze nzija okukikola, wabula Katonda yʼanaabuulira Falaawo amakulu gaakyo.”

Malayika wa Mukama nʼamulabikira ngʼasinziira mu muliro ogwaka, mu makkati gʼekisaka. Musa nʼatunuulira ekisaka, nʼalaba nga kyaka naye nga tekisiriira. Musa nʼayogera mu mwoyo gwe nti, “Leka nneetoolooleko neetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, ekyʼekitalo, ekireetedde ekisaka obutasiriira.” Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda nʼamuyita ngʼasinziira mu kisaka wakati nti, “Musa, Musa!” Musa nʼayitaba nti, “Nze nzuuno.” Katonda nʼamugamba nti, “Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo wʼoyimiridde kitukuvu.”

Awo Mukama nʼamubuuza nti, “Ekyo kiki ekiri mu ngalo zo?” Nʼaddamu nti, “Muggo.” Mukama Katonda nʼamugamba nti, “Gusuule wansi.” Musa nʼagusuula wansi; ne gufuuka omusota, nʼagudduka! Mukama nʼagamba Musa nti, “Golola omukono gwo ogukwate akawuuwo ogusitule.” Nʼagolola omukono gwe nʼagukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe. Mukama nʼamugamba nti, “Bwʼolikola bwʼotyo bagenda kukukkiriza, era balitegeera nga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.”

Mukama nʼamugamba nate nti, “Yingiza omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” Nʼayingiza omukono gwe munda mu kyambalo kye: bwe yaguggyaayo, laba, nga gujjudde ebigenge nga gutukula ngʼomuzira. Ate nʼamugamba nti, “Zzaayo omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” Musa nʼazzaayo omukono gwe mu kyambalo kye. Bwe yaguggyaayo, laba nga gufuuse mulamu ngʼomubiri gwe ogwa bulijjo. Katonda nʼagamba Musa nti, “Bwe batalikukkiririza ku kabonero akasoose, balikukkiririza ku kabonero akookubiri. Bwe bagaananga okukukkiriza nga bamaze okulaba obubonero obwo bwombi, osenanga amazzi mu mugga nʼogayiwa ku lukalu; amazzi ago gʼolisena mu mugga, galifuuka omusaayi ngʼogayiye ku lukalu.”

Alooni nʼabategeeza byonna Mukama bye yagamba Musa; era nʼabakolera nʼobubonero, ne bakkiriza. Era bwe baawulira nga Katonda yakyalira abaana ba Isirayiri, nʼalaba okubonaabona kwabwe, ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.

Naye ndikakanyaza omutima gwa Falaawo; ne bwe ndikolera ebyamagero ebingi ennyo mu nsi yʼe Misiri,

“Falaawo bwʼanaabagamba nti, ‘Mukoleeyo ekyamagero,’ nga ggwe ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi awali Falaawo,’ era gunaafuuka omusota.” Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni nʼasuula omuggo gwe wansi awali Falaawo nʼabaweereza be, ne gufuuka omusota. Falaawo naye nʼatumya basajja be abagezigezi, nʼabalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe agʼekyama. Kubanga nabo baasuula wansi emiggo gyabwe, ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe.

Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni nʼaddira omuggo gwe nʼakuba ku mazzi agʼomu mugga, nga Falaawo nʼabaweereza be balaba; amazzi gonna agʼomu mugga ne gafuuka omusaayi. Era nʼebyennyanja byonna mu mugga Kiyira ne bifa. Omugga ne guwunya, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ga mu mugga Kiyira; omusaayi ne gubuna wonna mu nsi yʼe Misiri. Abalogo abʼomu Misiri nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe agʼekyama. Omutima gwa Falaawo ne gweyongera okukakanyala, ebya Musa ne Alooni nʼatabiwuliriza era nga Mukama bwe yali agambye; nʼakyuka ne yeddirayo mu lubiri lwe, nga byonna ebibaddewo tabissizzaako mwoyo.

Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Ggenda ewa Falaawo omugambe nti, ‘Mukama agambye bwʼati nti, “Leka abantu bange bagende, balyoke bansinze. Naye bwʼonoogaana nʼotabakkiriza kugenda, laba, nnaasindika ebikere ne bijjula ensi yo yonna. Omugga gulivaamu ebikere enkumu ennyo ebirituuka ne mu lubiri lwo. Biriyingira mu kisenge kyo mwʼosula, ne ku kitanda kyo. Biriyingira mu nnyumba zʼabaweereza bo ne mu zʼabantu bo. Biriyingira ne mu byoto omufumbirwa. Ebikere birikuwalampa ne bikutambulirako ne ku bakungu bo bonna ne ku bantu bo.” ’ ” Mukama nʼagamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Golola omukono gwo oyolekeze omuggo gwo eri emigga, nʼeri emikutu gyʼamazzi, nʼeri ebidiba, osobozese ebikere okubuna ensi yonna eyʼe Misiri.’ ” Bwʼatyo Alooni nʼagolola omukono gwe ku mazzi gonna agʼomu Misiri; ebikere ne bivaayo ne bijjula ensi yonna eyʼe Misiri. Abalogo nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe agʼekyama, nabo ne baleeta ebikere mu nsi eyʼe Misiri.

Awo Mukama nʼayogera ne Musa nti, “Gamba Alooni bwʼoti nti, ‘Golola omuggo gwo, okube ku nfuufu eri ku ttaka, eryoke efuuke ensekere mu nsi yonna eyʼe Misiri.’” Ne bakola nga Mukama bwʼabagambye; Alooni nʼagolola omukono gwe ogwali gukute omuggo, nʼakuba ku nfuufu ku ttaka, ne muvaamu ensekere ne zitambulira ku bantu ne ku nsolo; enfuufu yonna mu nsi yʼe Misiri nʼefuuka nsekere. Abalogo nabo ne bagezaako mu magezi gaabwe agʼekyama okufuusa ensekere, naye ne balemwa. Ensekere ne ziteevuunya ku bantu ne ku nsolo. Abalogo ne bagamba Falaawo nti, “Engalo ya Katonda bino yʼebikoze.” Naye omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nʼatabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye.

Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Keera mu makya nnyo, ogende osisinkane Falaawo ngʼaserengeta ku mazzi omugambe nti, ‘Mukama agambye bwʼati nti, Leka abantu bange bagende, bansinze. Naye abantu bange bwʼotoobakkirize kugenda, laba, ndireeta ebikuukuulu byʼensowera, ku ggwe ne ku baweereza bo, ne ku bantu bo, ne mu nnyumba zammwe. Ensowera zirijjula mu mayumba ga Bamisiri ne ku ttaka kwe gaazimbibwa. “ ‘Naye ku lunaku olwo, ekitundu Goseni abantu bange gye babeera ndikiyisa mu ngeri ya njawulo; kubanga yo teribaayo bikuukuulu bya nsowera nʼakatono, olyoke otegeere nga nze, Mukama, ndi wano wakati mu nsi. Nzija kussaawo enjawulo wakati wʼabantu bange nʼabantu bo. Ekyamagero kino kijja kubaawo enkeera.’ ” Mukama nʼakola bwʼatyo. Ebikuukuulu byʼensowera ne byeyiwa mu lubiri lwa Falaawo, mu nnyumba ye, ne mu mayumba gʼabaweereza be, ne mu nsi yonna eyʼe Misiri: ensi nʼeyonooneka olwʼebikuukuulu byʼensowera.

Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Genda ewa Falaawo omugambe nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agambye nti, ‘Leka abantu bange bagende, bansinze. Singa ogaana okubakkiriza okugenda, nʼoyongera okubakuumira wano, Mukama ajja kusindika nsotoka omukambwe ennyo mu magana go agali mu malundiro, ne mu mbalaasi ne mu ndogoyi, ne mu ŋŋamira, ne mu zisseddume zʼente ne mu ndiga. Naye Mukama ajja kwawulamu amagana aga Isirayiri nʼaga Misiri, waleme kubaawo nsolo nʼemu efa mu magana agʼabaana ba Isirayiri.’ ” Mukama nʼalonda ekiseera, nʼagamba nti, “Enkya Mukama wʼanaakolera ekintu kino mu nsi eno.” Era enkeera Mukama nʼakola ekikolwa ekyo: amagana aga Misiri gonna ne gafa, naye ne wataba nsolo nʼemu ku magana agʼabaana ba Isirayiri eyafa. Falaawo nʼatuma abantu okwetegereza, ne basanga nga tewali wadde ensolo nʼemu eyʼabaana ba Isirayiri eyali efudde. Naye era omutima gwa Falaawo ne gusigala nga gukyakakanyadde, Abayisirayiri nʼatabakkiriza kugenda.

Awo Mukama nʼagamba Musa ne Alooni nti, “Muyoole mu kyokero embatu zʼomunyale, Musa agumanse waggulu mu bbanga nga ne Falaawo alaba. Gujja kufuuka nfuufu mu nsi yonna eyʼe Misiri, guleete amayute ku bantu ne ku nsolo aganaatulikamu amabwa mu nsi yonna eyʼe Misiri.” Bwe batyo ne bayoola omunyale mu kyokero, ne bagenda bayimirira mu maaso ga Falaawo. Musa nʼamansa evvu waggulu mu bbanga, ne lifuuka amayute, ne gatulikamu amabwa ku bantu ne ku nsolo. Abalogo ne batasobola kuyimirira mu maaso ga Musa olwʼamayute; kubanga amayute gaakwata abalogo nʼAbamisiri bonna. Naye Mukama nʼakakanyaza omutima gwa Falaawo, nʼatawuliriza Musa ne Alooni, era nga Mukama bwe yagamba Musa.

Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe ku nsi yonna eyʼe Misiri: gukube abantu, nʼensolo, ne buli kimera kyonna ekiri mu nnimiro mu Misiri.” Musa nʼayolekeza omuggo gwe eri eggulu; Mukama nʼasindika okubwatuka nʼomuzira; laddu ne yakira ku ttaka. Bwʼatyo Mukama nʼatonnyesa omuzira ku nsi yʼe Misiri. Omuzira ne gugwa, nʼokumyansa ne kwetabika nʼomuzira awatali kusalako, ne guba mungi nnyo, nga tegugwangako bwe gutyo kasookedde ensi ya Misiri efuuka ggwanga. Omuzira gwakuba buli kintu kyonna ekyali ebweru mu nnimiro mu nsi yonna eyʼe Misiri: abantu nʼensolo; era omuzira ne gukuba buli kimera kyonna mu nnimiro, ne gusensebula emiti gyonna ku ttale. Ekitundu kyokka ekitaatuukwamu muzira, kye kya Goseni, abaana ba Isirayiri gye baabeeranga. Awo Falaawo nʼatumya Musa ne Alooni, nʼabagamba nti, “Leero luno nnyonoonye; Mukama ye mutuufu, naye nze nʼabantu bange ffe bakyamu.

Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nsi ya Misiri oyite enzige, zijje ku nsi ya Misiri, zirye buli kantu konna akamera mu nnimiro, nʼebyo byonna omuzira bye gwataliza.” Musa nʼagolola omuggo gwe ku nsi ya Misiri; Mukama Katonda nʼaleeta embuyaga ezaava ebuvanjuba, ne zikunta olunaku olwo lwonna nʼekiro kyonna. Obudde bwe bwakya embuyaga ne zireeta enzige. Enzige nnyingi nnyo ne zigwa ku nsi yonna eyʼe Misiri, ne zigisaanikira, okuva ku nsalo yaayo eyʼoluuyi olumu okutuuka ku yʼoluuyi olulala. Zaali nzige za kabi kanene, nga tewalabikanga ziri ngʼezo, era tezigenda kulabika. Zaabuutikira ensi yonna, ne wabaawo ekizikiza ku nsi; ne zirya buli kimera kyonna mu nsi, nʼebibala byonna ebyʼemiti omuzira bye gwali gutalizza; era tewaasigalawo kintu kyonna kya kiragala ku miti nʼebimera mu nnimiro, mu nsi yonna eyʼe Misiri. Awo Falaawo nʼatumya Musa ne Alooni bunnambiro, nʼabagamba nti, “Nnyonoonye eri Mukama Katonda wammwe ne gye muli.

Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Golola omukono gwo waggulu eri eggulu, wabeewo ekizikiza ku nsi eyʼe Misiri; ekizikiza ekiyinza nʼokuwulikika.” Musa nʼagolola omukono gwe eri eggulu; ne wabaawo ekizikiza ekikwafu mu nsi yonna eyʼe Misiri okumala ennaku ssatu. Abantu bonna nga tewali asobola kulaba munne; era tewaali yaseguka kuva mu kifo kye wʼabeera okumala ennaku ssatu. Naye bo abaana ba Isirayiri ewaabwe ngʼobudde bulaba.

Awo ekiro mu ttumbi Mukama nʼatta ebibereberye byonna mu nsi yʼe Misiri, okuviira ddala ku mubereberye wa Falaawo eyali owʼokumusikira, okutuuka ku mubereberye wʼomusibe ali mu kkomera; era nʼente embereberye zonna. Falaawo nʼazuukuka mu kiro wakati, ye nʼabaweereza be bonna, nʼAbamisiri bonna; Misiri yonna nʼejjula okukungubaga, kubanga tewaaliwo nnyumba nʼemu omutaafa muntu. Mu kiro ekyo Falaawo nʼatumya Musa ne Alooni nʼabagamba nti, “Musituke! Mutuviire, nze nʼabantu bange, mmwe nʼabaana ba Isirayiri. Mugende musinze Mukama nga bwe mwansaba. Mutwale amagana gammwe nʼebisibo byammwe nga bwe mwansaba, mugende; nange munsabirangayo omukisa!” Awo Abamisiri ne basindiikiriza abaana ba Isirayiri banguwe okubaviira mu nsi yaabwe; kubanga baagamba nti, “Ffenna tufa tuggwaawo!”

Awo malayika wa Katonda eyali akulembera abaana ba Isirayiri nʼakyuka nʼabadda emabega; nʼempagi eyʼekire ne yejjulula okuva mu maaso gaabwe, nʼeyimirira emabega waabwe: Bwʼetyo nʼebeera wakati wʼabaana ba Isirayiri nʼeggye lyʼAbamisiri. Ekiro, ekire ne kireeta ekizikiza ku ludda lwʼAbamisiri, naye ne kireeta omuliro okumulisa oludda lwʼAbayisirayiri; ekiro kyonna ne wataba ggye lisemberera linnaalyo. Awo Musa nʼagolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama nʼasindika ku nnyanja embuyaga ezʼamaanyi ezaava ebuvanjuba, ne zigobawo amazzi ekiro kyonna, ne lufuuka lukalu, ngʼamazzi gayawuddwamu. Abaana ba Isirayiri ne bayita wakati mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu, ngʼamazzi gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo nʼolwa kkono. Abamisiri ne babawondera ne bayingira wakati mu nnyanja nʼamagaali ga Falaawo gonna, nʼembalaasi ze, nʼabasajja be abeebagadde embalaasi. Awo mu makya ennyo nga tebunnalaba, Mukama nʼatunuulira eggye lyʼAbamisiri ngʼali mu mpagi eyʼekire nʼomuliro, nʼatandika okulibonyaabonya. Amagaali gaabwe yagamaamulako zinnamuziga, ne gabakaluubirira okuvuga. Abamisiri nʼokugamba ne bagamba nti, “Leka Abayisirayiri tubadduke! Kubanga Mukama alwanyisa Misiri ngʼabalwanirira.” Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gakomewo gaggweere ku Bamisiri, ne ku magaali gaabwe, ne ku basajja baabwe abeebagadde embalaasi.” Bwʼatyo Musa nʼagololera ennyanja omukono gwe, obudde bwe bwakya nʼekomawo nʼamaanyi, Abamisiri ne bagidduka nga balaba ejja; Mukama, Abamisiri nʼabasaanyaawo wakati mu nnyanja. Amazzi ne gakomawo ne gasaanikira amagaali nʼabeebagadde embalaasi, nʼeggye lya Falaawo lyonna eryali ligoberedde Abayisirayiri mu nnyanja. Tewaali nʼomu ku bo eyawona. Naye abaana ba Isirayiri bo nga batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja, amazzi nga gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo ne ku lwa kkono.

ngʼagamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe nʼobwegendereza, ne mukola ebyo byʼalaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde nʼemu, ngʼezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”

nʼabagamba nti, “Muwulirize ebigambo byange: Mu mmwe bwe mubaamu nnabbi wa Mukama Katonda, Nneeraga gyʼali mu kulabikirwa, oba njogera naye mu birooto.

tewalibaawo nʼomu ku bantu abaalaba ekitiibwa kyange nʼobubonero obwʼebyamagero bwe nakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne batagondera ddoboozi lyange wabula ne bangezesa nga bankema emirundi kkumi,

Mwasembera ne muyimirira wansi wʼolusozi, ne mulaba nga lwaka omuliro ogwatuukira ddala waggulu ku ggulu, nga gwetooloddwa ebire nʼekizikiza ekikutte.’ Bwʼatyo Mukama Katonda nʼayogera nammwe ngʼasinziira wakati mu muliro. Mwawulira envuga yʼebigambo bye, naye ekikula kye temwakiraba; mwakoma ku ddoboozi lyokka. Yabategeeza endagaano ye eyali mu Mateeka Ekkumi, ge yawandiika ku bipande byʼamayinja ebibiri, nʼabalagira okugagobereranga.

Abantu abamawanga amalala baali bawuliddeko ku ddoboozi lya Katonda ngʼayogerera mu muliro, ne basigala nga bakyali balamu, nga mmwe bwe mwaliwulira ne muba balamu? Nantiki, waali wabaddewo katonda eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga erimu ngʼaliggya wakati mu ggwanga eddala, ngʼataddewo ebigezo, nʼokukola ebyamagero, nʼobubonero, nʼebyewuunyo, nʼentalo, ngʼalaga omukono gwe ogwʼamaanyi, nʼomukono gwe omuwanvu; oba nʼebikolwa ebinene ebitiisa, okufaanana ngʼebintu Mukama Katonda wammwe bye yabakolera nga muli mu Misiri, nga mwenna mutunula?

Mukama Katonda nʼalaga obubonero obwʼekitalo, nʼakola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo nʼabʼomu maka ge bonna, nga naffe tulaba.

Mukama takkirizenga ndwadde yonna kukukwata. So taakuleeterenga ndwadde ezo ezʼakabi, ze wamanyanga, ezʼe Misiri, naye anaazireeteranga abo bonna abakukyawa.

Weerabirako nʼamaaso go gennyini ebibonoobono, nʼobubonero obwʼebyamagero, nʼebyʼekyewuunyo, Mukama bye yakozesa okukuggya mu nsi yʼe Misiri nʼomukono gwe omuwanvu ogwʼamaanyi. Mukama Katonda wo bwʼatyo bwʼanaakolanga amawanga ago gonna gʼotya.

Era yakukkakkanya nʼakulumya enjala, nʼakuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda. Mu myaka gino gyonna amakumi ana, engatto zo tezaakukaddiwako nʼebigere byo tebyazimba.

Okuva olwo tewayimukangawo nnabbi mulala mu Isirayiri afaanana nga Musa, Mukama Katonda gwe yamanyagana naye amaaso nʼamaaso. Tewaaliwo yamwenkana olwʼobubonero nʼebyamagero Mukama Katonda bye yamutuma okukola mu nsi yʼe Misiri ku Falaawo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna, era nʼolwʼekitiibwa kye ekyʼamaanyi amangi, nʼobuyinza obwʼentiisa bwe yayoleka mu Isirayiri yenna.

Awo Abayisirayiri ne basimbula weema zaabwe okusomoka Yoludaani nga bakulembeddwamu bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama. Omugga Yoludaani gwanjaala mu kiseera ekyʼamakungula kyonna. Mu kiseera ekyo bakabona abasitudde Essanduuko we baalinnyira ebigere byabwe ku Yoludaani. Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. Nʼago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja eyʼOmunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko. Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama ne bayimirira wakati mu Yoludaani awatakyali mazzi okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka.

Ku lunaku olwʼomusanvu baakeera mu matulutulu ne beetooloola ekibuga nga bulijjo, kyokka olwo lwe lwali olunaku lwokka lwe baakyetooloola emirundi omusanvu. Ku mulundi ogwʼomusanvu nga bakabona bamaze okufuuwa amakondeere, Yoswa nʼalagira abantu nti, “Muleekaane kubanga Mukama abawadde ekibuga. Era ekibuga nʼebintu byamu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe okuggyako Lakabu yekka malaaya, oyo nʼabantu be baanaabeera nabo mu nju ye. Kubanga yakweka abakessi baffe be twasindikayo. Naye mmwe mwekuume ebyo ebiweereddwayo eri Mukama okuzikirizibwa muleme kubitwala kubanga kiyinza okuleetera Abayisirayiri bonna ekikolimo nʼokuzikirira. Kyokka ffeeza ne zaabu nʼebintu byonna ebyʼekikomo nʼebyʼekyuma bitukuvu eri Mukama era byakutereka mu ggwanika lya Mukama.” Awo Abayisirayiri ne baleekaana nnyo, amakondeere bwe gaavuga. Amangu ennyo ngʼamakondeere gakavuga Abayisirayiri ne boogera nʼeddoboozi eryʼomwanguka, era ekisenge kya bbugwe ekyebunguludde ekibuga Yeriko ne kyegonnomola wansi. Awo ne bayingira ne bakiwamba.

Yoswa nʼagamba Mukama ku lunaku olwo Abayisirayiri lwe battirako Abamoli, nga nʼAbayisirayiri bonna bawulira nti, “Ggwe enjuba, yimirira butengerera waggulu wa Gibyoni, naawe omwezi kola bwʼotyo waggulu wʼekiwonvu Ayalooni.” Enjuba nʼomwezi ne bikola nga bwe babiragidde okutuusa Abayisirayiri lwe baamala okuseseggula abalabe baabwe. Bino byonna byawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Enjuba nʼeyimirira butengerera ku ggulu nʼeteva mu kifo okumala olunaku lulamba.

Awo Samusooni ne kitaawe ne nnyina ne bagenda e Timuna. Bwe baali basemberedde ennimiro zʼemizabbibu egyʼomu Timuna, empologoma ento nʼewuluguma nga bwʼemulumba. Awo Omwoyo wa Mukama Katonda nʼamukkako, nʼayuzaayuza empologoma nʼemikono gye ngʼayuzaayuza akabuzi akato, naye nʼatabaako kyʼategeeza kitaawe newaakubadde nnyina.

Samusooni nʼakwata empagi zombi ezaali wakati mu ssabo we yali ayimiridde, nʼazeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku mpagi emu, nʼomukono ogwa kkono nga guli ku ndala. Samusooni nʼayogera nti, “Leka nfiire wamu nʼAbafirisuuti.” Nʼasindika nʼamaanyi ge gonna, essabo ne ligwa ku bakulembeze, nʼabantu bonna abaalimu naye, era nʼatta bangi mu kufa kwe okusinga ne be yatta nga mulamu.

ne bagisitula ne bagiteeka mu ssabo lya Dagoni, okuliraana Dagoni. Awo abantu ba Asudodi bwe baagolokoka enkeera, baasanga Dagoni agudde mu maaso gʼessanduuko ya Mukama. Ne basitula Dagoni ne bamuzzaawo. Era ne bwe baagolokoka enkeera ku lunaku olwaddirira, baasanga Dagoni agudde mu maaso gʼessanduuko ya Mukama, ngʼomutwe gwe nʼemikono gye bikutuseeko nga bigudde mu mulyango, ngʼekiwuduwudu kye, kye kisigaddewo.

Omukono gwa Mukama ne gubonereza abantu bʼe Asudodi nʼemiriraano, nʼabaleetako entiisa era ne bakwatibwa ebizimba. Awo abantu bʼe Asudodi bwe baalaba ebyabatuukako ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri teteekwa kusigala wano naffe, kubanga omukono gwe gutuliko era guli ne ku lubaale waffe Dagoni.” Ne bakuŋŋaanya abakungu bonna abʼAbafirisuuti ne bababuuza nti, “Tunaakola tutya essanduuko ya Katonda wa Isirayiri?” Ne baddamu nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri etwalibwe e Gaasi.” Awo ne batwala eyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri. Naye bwe baagituusa eyo, omukono gwa Mukama ne gulwana nʼekibuga ekyo, ne waba okutya kungi nnyo nnyini mu batuuze bʼekibuga ekyo. Abakulu nʼabato nʼabaleetako ebizimba ku bitundu byabwe ebyʼekyama. Kyebaava baweereza essanduuko ya Katonda mu Ekuloni. Naye essanduuko ya Katonda bwe yali ngʼeneetera okutuuka mu Ekuloni, Abaekuloni ne bakaaba nga boogera nti, “Batuleetedde essanduuko ya Katonda wa Isirayiri, okututta nʼabantu baffe.” Awo ne bakuŋŋaanya abakungu bonna abʼAbafirisuuti, ne babagamba nti, “Muzzeeyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri mu kifo kyayo, ereme kututta ffe nʼabantu baffe.” Omukono gwa Katonda gwali gubazitooweredde nnyo era nga bajjudde entiisa eyʼokufa. Abo abataafa baalwala ebizimba, okukaaba mu kibuga ne kutuuka mu ggulu.

Naye nsanvu ku basajja abʼe Besusemesi ne bafa kubanga balingiza mu ssanduuko ya Mukama. Abantu ne banakuwala nnyo olwʼekibonerezo ekinene Mukama kye yabawa, era abantu bʼe Besusemesi ne beebuuza nti, “Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono omutukuvu? Essanduuko ya Mukama tugiweereze ani?”

Naye Dawudi nʼaddamu Sawulo nti, “Omuweereza wo amaze ebbanga ngʼalunda endiga za kitaawe, era bwe waabangawo empologoma oba eddubu eyajjanga nʼetwala omwana gwʼendiga okuva mu kisibo, nagigobereranga, ne ngikuba, ne mponya omwana gwʼendiga nga nguggya mu kamwa kʼensolo eyo. Bwe yankyukiranga nʼeyagala okunzita, nga ngikwata oluba ne ngikuba ne ngitta. Omuweereza wo yattako ku mpologoma nʼeddubu. Omufirisuuti ono atali mukomole anaaba ngʼemu ku zo, kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.” Dawudi nʼayogera nti, “Mukama eyamponya enjala zʼempologoma nʼenjala zʼeddubu, alimponya ne mu mukono gwʼOmufirisuuti oyo.” Awo Sawulo nʼagamba Dawudi nti, “Genda, era Mukama abeere naawe.”

Naye Dawudi nʼagamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi nʼekitala nʼeffumu, naye nze nzija gyʼoli mu linnya lya Mukama owʼeggye, Katonda wʼeggye lya Isirayiri gwʼosoomooza. Olwa leero Mukama anaakuwaayo mu mukono gwange, ne nkukuba era ne nkusalako omutwe. Olwa leero nnaagabira emirambo egyʼeggye eryʼAbafirisuuti eri ebinyonyi ebyʼomu bbanga nʼeri ensolo enkambwe ezʼensi, ensi yonna eryoke etegeere nga waliwo Katonda mu Isirayiri. Abo bonna abakuŋŋaanye wano banaategeera nga Mukama talokola na kitala wadde effumu, kubanga olutalo, lwa Mukama era mwenna agenda kubawaayo mu mukono gwaffe.” Awo Omufirisuuti bwe yali ngʼasembera okulumba Dawudi, Dawudi nʼadduka mbiro okumusisinkana. Dawudi nʼaggya ejjinja mu nsawo ye nʼalivuumuula ne likwasa Omufirisuuti mu kyenyi; nʼagwa nga yeevuunise, nʼejjinja nga liyingidde mu kyenyi kye. Bwʼatyo Dawudi nʼawangula Omufirisuuti nʼenvuumuulo nʼejjinja, nʼamukuba nʼamutta nga Dawudi talina kitala kyʼakutte. Dawudi bwe yamala okutta Omufirisuuti, nʼadduka nʼamuyimirirako, nʼasowola ekitala kyʼOmufiisuuti okuva mu kiraato kyakyo, nʼamutemako omutwe nakyo. Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ngʼafudde ne badduka.

Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, ente bwe zeesittala, Uzza nʼagolola omukono gwe nʼakwata ku ssanduuko ya Katonda. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza olwʼekikolwa ekyo, Katonda nʼamuttira awo okumpi nʼessanduuko ya Katonda.

Awo Eriya Omutisubi owʼe Tisubi mu Gireyaadi, nʼagamba Akabu nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri gwe mpeereza nga bwʼali omulamu, tewaabe musulo newaakubadde enkuba mu myaka egijja wabula olwʼekigambo kyange.”

Nʼaddamu nti, “Mukama nga bwʼali omulamu, sirina mugaati okuggyako olubatu lwʼobutta mu kibya nʼotufuta mu kasumbi, era kaakano nkuŋŋaanya buku mbutwale eka neefumbire nze nʼomwana wange tubulye tufe.” Eriya nʼamugamba nti, “Totya. Genda eka okole nga bwʼogambye. Naye sooka onfumbire akagaati, okuva mu byʼolina okandeteere, oluvannyuma weefumbire ggwe nʼomwana wo. Kubanga kino Mukama Katonda wa Isirayiri kyʼagamba nti, ‘Ekibya kyʼobutta tekiriggwaamu, so nʼakasumbi kʼamafuta tekalikalira okutuusa olunaku Mukama lwʼalitonyesa enkuba ku nsi.’ ” Nʼagenda nʼakola nga Eriya bwe yamugamba, era ne waba emmere bulijjo eya Eriya ne nnamwandu nʼamaka ge. Ekibya kyʼobutta tekyakendeera wadde akasumbi kʼamafuta okukalira, ngʼekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Eriya bwe kyali.

Bwe waayitawo ebbanga, omwana wa nnamwandu nʼalwala nnyo, obulwadde ne bweyongera okutuusa lwe yafa. Nnamwandu nʼagamba Eriya nti, “Kiki kyʼonnanga, omusajja wa Katonda? Wajja okunzijukiza ekibi kyange nʼokutta omwana wange?” Eriya nʼamuddamu nti, “Mpa omwana wo.” Nʼamuggya mu kifuba kye, nʼamusitula nʼamutwala mu kisenge ekya waggulu gye yabeeranga, nʼamugalamiza ku kitanda kye. Nʼakoowoola Mukama ngʼagamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, ne nnamwandu ono gwe mbeera naye omuleeseko ekikangabwa kino, nʼotta omwana we?” Eriya ne yeegololera ku mulenzi emirundi esatu, nʼakaabira Mukama ngʼagamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, obulamu bwʼomulenzi ono bukomewo nate!” Mukama nʼawulira okukaaba kwa Eriya, obulamu bwʼomulenzi ne bumuddamu, era nʼalama. Awo Eriya nʼasitula omwana nʼamuserengesa okuva mu kisenge nʼamuleeta mu nnyumba, nʼamuwa nnyina, nʼamugamba nti, “Laba mutabani wo mulamu!” Awo nnamwandu nʼagamba Eriya nti, “Kaakano ntegedde ngʼoli musajja wa Katonda, era nʼekigambo kya Mukama ekiva mu kamwa ko kiba kya mazima.”

Nʼazimba ekyoto mu linnya lya Mukama nʼamayinja ago, nʼasima olusalosalo okwetooloola ekyoto, ngʼalugyamu lita kkumi na ttaano ezʼamazzi. Nʼatindikira enku, nʼatemaatema ente, nʼagiteekako. Nʼalyoka abagamba nti, “Mujjuze ebibya bina amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ne ku nku.” Nʼabagamba baddemu bakole bwe batyo omulundi ogwokubiri, ne bakiddamu, ate era nʼabagamba okuddamu omulundi ogwokusatu ne baddamu ogwokusatu nga bwe yalagira. Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto, nʼokujjula ne gajjula olusalosalo. Mu kiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi, nnabbi Eriya nʼasembera mu maaso nʼasaba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isirayiri, olwa leero kimanyibwe nti Ggwe Katonda mu Isirayiri, era nti nze muddu wo, era nkoze ebintu bino byonna olwʼekigambo kyo. Onziremu, Ayi Mukama, onziremu, abantu bano bamanye, Ayi Mukama nti Ggwe Katonda, era nti ggwe okyusa emitima gyabwe okudda gyʼoli.” Omuliro gwa Mukama ne gulyoka gugwa ne gwokya ekiweebwayo, nʼenku, nʼamayinja, nʼettaka, ne gumalirawo ddala nʼamazzi mu lusalosalo. Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!”

Awo Eriya nʼaddira omunagiro gwe nʼaguzinga wamu nʼakuba amazzi ne gaawulibwamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo nʼamalala ku luuyi olwa kkono, bombi ne bayita ku lukalu.

Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali eyʼomuliro nʼembalaasi ezʼomuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya nʼatwalibwa mu ggulu mu mbuyaga eyʼamaanyi. Awo Erisa bwe yalaba ekyo, nʼayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali nʼabeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa nʼataddamu kumulaba nate. Nʼaddira engoye ze yali ayambadde, nʼaziyuzaayuza. Waaliwo omunagiro ogwali gusuulibbwa Eriya ngʼatwalibwa mu ggulu, era ogwo Erisa gwe yalonda nʼaddayo ku mugga Yoludaani nʼayimirira ku lubalama lwʼomugga. Nʼaddira omunagiro gwe yali alonze nʼaguzinga nʼakuba amazzi nʼayogera nti, “Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo nʼamalala ku luuyi olwa kkono, nʼasomoka.

Erisa bwe yava eyo nʼakwata ekkubo erigenda e Beseri. Naye ngʼali mu kkubo, nʼasisinkana abavubuka abʼomu kibuga ekyo ne bamusekerera nga bwe boogera nti, “Mulabe owʼekiwalaata! Mulabe owʼekiwalaata!” Nʼakyuka nʼabatunuulira, nʼabakolimira mu linnya lya Mukama. Awo ebisolo ebinene bibiri ebyʼekika ekyʼeddubu ne biva mu kibira ne bitaagulataagula abavubuka amakumi ana mu babiri ku bo.

Erisa nʼamuddamu nti, “Oyagala nkuyambe ntya? Ntegeeza, olina ki mu nnyumba?” Nʼamugamba nti, “Omuweereza wo kyʼalinawo kyokka mu nnyumba twe tufuta otutono ennyo.” Erisa nʼamugamba nti, “Genda mu baliraanwa bo bonna obeeyazikeko ebintu ebyereere, nga bingi ddala. Oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ggwe ne batabani bo, ottululire amafuta mu bintu ebyo byonna, ngʼekijjula kyʼossa wa bbali.” Bwe yava waali nʼaddayo eka ne yeggalira mu nnyumba ye nʼabaana be. Ne bamuleetera ebita nga ye bwʼattulula. Ebintu byonna ebyali awo bwe byajjula, nʼagamba omu ku batabani be nti, “Ndeetera ekintu ekirala.” Naye nʼamuddamu nti, “Biweddeyo.” Awo amafuta ne gakoma. Amangwago nnamwandu nʼaddayo ewʼomusajja wa Katonda. Omusajja wa Katonda nʼamugamba nti, “Genda otunde amafuta ago, osasule amabanja go, ebinaafikkawo bikuliisenga ggwe ne batabani bo.”

Awo Erisa nʼatuuka ku nnyumba, nʼagenda butereevu mu kisenge gye yasanga omulambo gwʼomwana nga gugalamiziddwa ku kitanda kye. Nʼayingira ekisenge, ne yeggalirayo, nʼatandika okusaba Mukama. Nʼalinnya waggulu ku kitanda nʼagalamira ku mulambo, omumwa ku mumwa, amaaso ku maaso, nʼemikono ku mikono ebyʼomulambo. Mu kiseera ekyo ngʼakyagugalamiddeko ne gutandika okubuguumirira. Erisa nʼayimuka, nʼatambulatambula mu kisenge, nʼoluvannyuma nʼaddamu nʼagalamira ku mulambo. Omulenzi nʼayasimula emirundi musanvu, omulenzi nʼazibula amaaso ge.

Buli muntu ne bamusenera ku nva; naye bwe baaziryako, ne bayogerera waggulu nti, “Omusajja wa Katonda mu ntamu mulimu okufa.” Ne batazirya. Erisa nʼagamba nti, “Mundeetereyo obuwunga.” Ne babumuleetera nʼabuteeka mu ntamu yʼenva, nʼabagamba nti, “Mugabule abantu balye.” Ne wataba kabi mu ntamu yʼenva. Waaliwo omusajja eyava e Baalusalisa, nʼaleetera omusajja wa Katonda emigaati egya sayiri kumi nʼebiri nga mmere eyʼokubibala ebibereberye, ate era nʼamuleetera nʼebirimba ebyʼeŋŋaano embisi. Erisa nʼagamba omuweereza we nti, “Bigabire abantu babirye.” Omuweereza we nʼamuddamu nti, “Bino mbigabula ntya abantu ekikumi?” Naye Erisa nʼamuddamu nti, “Bigabire abantu babirye, kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Banaalya ne bibalemeranawo.’ ” Nʼabibagabula, ne balya, ne bibalemeranawo, ngʼekigambo kya Mukama bwe kyali.

Erisa nʼatuma omubaka okumugamba nti, “Genda, onaabe mu Yoludaani emirundi musanvu, onoowonyezebwa, omubiri gwo ne gudda buto.” Naye Naamani nʼanyiiga, nʼagenda nga yeemulugunya nti, “Ndowoozezza nti anaavaayo nʼajja, nʼayimirira nʼakoowoola erinnya lya Mukama Katonda we, nʼawuba omukono gwe ku bitundu ebirina ebigenge, nʼamponya. Abana ne Faafa, emigga gyʼe Damasiko tegisinga amazzi gonna agʼomu Isirayiri? Lwaki sinaabira mu gyo ne mponyezebwa?” Nʼakyuka nʼagenda ngʼajjudde obusungu bungi. Naye abaddu ba Naamani ne bamusemberera, ne bamugamba nti, “Kitaffe, singa nnabbi yakulagidde okukola ekyobuzira, tewandikikoze? Lwaki kikukaluubiridde bwʼakugambye nti, ‘Nnaaba obe mulongoofu?’ ” Nʼaserengeta nʼagenda ne yebbika mu Yoludaani emirundi musanvu, ngʼomusajja wa Katonda bwe yamulagira, nʼaba mulongoofu, omubiri gwe ne guba ngʼogwʼomwana omuto.

Naye omu ku bo bwe yali ngʼatema omuti, omutwe gwʼembazzi ye ne gusowokamu ne gugwa mu mazzi, nʼayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange, nagyeyazise bweyazisi!” Awo omusajja wa Katonda nʼamubuuza nti, “Yagudde wa?” Bwe yamulaga ekifo, Erisa nʼatema akati, nʼakakanyuga mu kifo ekyo, ekyuma ne kiva wansi ne kiseeyeeya kungulu ku mazzi. Erisa nʼamugamba nti, “Giggyeemu.” Omusajja nʼagiggyamu.

Awo olwatuuka kabaka wa Busuuli yali atabadde Isirayiri, ne yeebuza ku baserikale be ngʼagamba nti, “Kifo ki mwe ndikuba olusiisira lwange?” Naye mu kiseera kye kimu omusajja wa Katonda nʼaweereza kabaka wa Isirayiri obubaka nti, “Weegendereze obutayita mu kifo gundi, kubanga Abasuuli bajja kubeerayo.” Awo kabaka wa Isirayiri nʼatuma bakebere mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yayogerako. Era bulijjo Erisa yamulabulanga, kabaka nʼawona si mulundi gumu so si ebiri. Ekyo kyanyiiza nnyo kabaka wa Busuuli, era nʼayita abaserikale be, nʼababuuza nti, “Muntegeeze, ani mu ffe ali ku ludda lwa kabaka wa Isirayiri?” Omu ku bo nʼamuddamu nti, “Tewali nʼomu ku ffe mukama wange kabaka, naye Erisa nnabbi ali mu Isirayiri, yʼategeeza kabaka wa Isirayiri, ebigambo byʼoyogerera mu kisenge kyo.”

Omuweereza owʼomusajja wa Katonda bwe yazuukuka ku makya nʼafuluma ebweru, laba, eggye eririna embalaasi, nʼamagaali nga lyetoolodde ekibuga. Omuweereza nʼayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange tunaakola tutya?” Nnabbi nʼaddamu nti, “Totya kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.” Awo Erisa nʼasaba ngʼagamba nti, “Ayi Mukama, zibula amaaso ge asobole okulaba.” Amangwago Mukama nʼazibula amaaso agʼomuweereza, laba ngʼensozi zijjudde embalaasi nʼamagaali agʼomuliro nga geetoolodde Erisa. Abalabe bwe baaserengeta okulumba Erisa, nʼasaba Mukama, nʼayogera nti, “Nkwegayiridde, ozibe amaaso gʼabantu bano.” Nʼaziba amaaso gaabwe nga Erisa bwe yamusaba. Erisa nʼabagamba nti, “Lino si lye kkubo, era kino si kye kibuga. Mungoberere, mbatwale eri omusajja gwe munoonya.” Nʼabakulemberamu nʼabatwala e Samaliya. Olwayingira mu kibuga, nʼasaba Mukama nti, “Zibula amaaso gʼabasajja bano, balabe.” Mukama nʼazibula amaaso gaabwe, ne batunula, laba nga bali mu Samaliya wakati.

Awo olwatuuka, Abayisirayiri abamu baali baziika omusajja, ne balengera ekibinja ekyʼabasajja nga kijja, ne basuula omulambo gwe mu ntaana ya Erisa ne badduka. Omulambo gwe bwe gwʼakoma ku magumba ga Erisa omusajja nʼalamuka, era nʼayimirira.

Isaaya nʼaddamu nti, “Kano ke kaliba akabonero gyʼoli okuva eri Mukama nti ajja kutuukiriza kye yasuubiza: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaaddayo emabega amadaala kkumi?” Keezeekiya nʼaddamu nti, “Kintu kyangu nnyo ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi, Noolwekyo kiddeyo emabega amadaala kkumi.” Awo Isaaya nʼakoowoola erinnya lya Mukama, era Mukama nʼazzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi okuva ne we kyali ku madaala ga Akazi.

Mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu mwenda ogwʼobufuzi bwe, Asa nʼalwala ebigere. Newaakubadde ngʼobulwadde bweyongera, teyanoonyanga buyambi okuva eri Mukama, yabunoonyanga mu basawo bokka.

Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, nʼokugwa nʼagwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, nʼokuyingira nʼayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto ekyʼobubaane. Azaliya kabona ne bakabona ba Mukama abalala abazira kinaana ne bagenda gyʼali, ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.” Awo Uzziya nʼasunguwala ngʼakyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ngʼasunguwalidde bakabona ngʼayimiridde ku mabbali gʼekyoto ekyʼobubaane mu yeekaalu ya Mukama, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna. Awo Azaliya kabona asinga obukulu ne bakabona abalala bwe bamutunuulira, ne balaba ngʼakwatiddwa ebigenge mu kyenyi kye ne banguwa okumufulumya ebweru. Ate era naye yennyini nʼayagala okufuluma kubanga Mukama yali amukubye omuggo.

Waweereza obubonero obwewuunyisa nʼebyamagero eri Falaawo, nʼeri abakungu be, nʼeri abantu be bonna abʼensi ye, kubanga wamanya engeri Abayisirayiri gye baajoogebwamu. Weekolera erinnya eryayatiikirira, nʼokutuusa leero.

Naye nze, nzija kunoonya Katonda era mmulekere ensonga zange. Akola ebikulu, ebitanoonyezeka, ebyewuunyisa ebitabalika.

Naye mmwe mumpayiriza; muli basawo abatagasa mmwe mwenna!

Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe, nʼomponya.

Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde; nʼamuwonya mu bulumi. Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”

Ggwe Katonda akola ebyʼamagero; era amaanyi go ogalaga mu mawanga.

Asonyiwa ebibi byo byonna, nʼawonya nʼendwadde zo zonna. Anunula obulamu bwo emagombe, nʼakusaasira era nʼakwagala nʼokwagala okutaggwaawo. Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala; obuvubuka bwo ne budda buggya ngʼempungu.

Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese, era ajjanjaba ebiwundu byabwe.

Noolwekyo Mukama Katonda yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri.

Naye yafumitibwa olwʼokusobya kwaffe. Yabetentebwa olwʼobutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera nʼemirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya.

Naye ndikuzzaawo owone, ndiwonya ebiwundu byo,” bwʼayogera Mukama, “kubanga oyitibwa eyasuulibwa, Sayuuni atalina nʼomu amufaako.”

Wakola obubonero nʼebikolwa ebyamagero mu Misiri era weeyongedde okubikola leero, wonna mu Isirayiri ne mu bantu bonna era erinnya lyo lyeyongedde okwatiikirira. Waggya abantu bo Isirayiri mu Misiri nʼobubonero nʼebyʼamagero, nʼomukono gwo ogwʼamaanyi gwe wagolola nʼentiisa eyʼamaanyi.

Omukono gwa Mukama gwali ku nze, Mwoyo wa Mukama nʼanfulumya, nʼandeeta wakati mu kiwonvu ekyali kijjudde amagumba. Nʼagannaambuza, ne ndaba amagumba mangi, amakalu ennyo wansi mu kiwonvu. Nʼambuuza nti, “Omwana wʼomuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu?” Ne nziramu nti, “Ggwe Ayi Mukama Katonda, ggwe wekka gwʼomanyi.” Awo nʼaŋŋamba nti, “Wa obunnabbi ku magumba gano, oyogere nti, ‘Mmwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo kya Mukama! Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda eri amagumba gano nti, Laba ndibateekamu omukka ne mufuuka abalamu. Ndibateekako ebinywa nʼennyama ne mbabikkako nʼolususu; ndibateekamu omukka, ne mufuuka abalamu. Olwo mulimanya nga nze Mukama.’ ” Awo ne njogera nga bwe nalagirwa. Awo bwe nnali nga njogera, ne waba eddoboozi, ngʼebintu ebikubagana, amagumba ne geegatta, buli limu ku linnaalyo. Ne ntunula, ebinywa nʼennyama ne birabika ku go, nʼolususu ne luddako, naye temwali mukka. Awo nʼaŋŋamba nti, “Wa obunnabbi eri omukka; yogera omwana wʼomuntu, ogambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ggwe omukka vva eri empewo ennya, oyingire mu battibwa, babe balamu.’ ” Ne mpa obunnabbi nga bwe yandagira, omukka ne gubayingiramu ne balamuka, ne bayimirira, era ne baba eggye ddene nnyo.

Kabaka nʼabuuza Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nti, “Oyinza okuntegeeza ekirooto kye nalabye, nʼamakulu gaakyo?” Danyeri nʼaddamu kabaka nti, “Tewali muntu mugezigezi, newaakubadde omufumu, newaakubadde omulaguzi, newaakubadde omulogo asobola okutegeeza kabaka ekigambo kye yasabye. Waliwo Katonda owʼomu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ezʼenkomerero. Ekirooto nʼokwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino. “Bwe wali ngʼogalamidde mu kitanda kyo, ayi kabaka omutima gwo ne gutandika okulowooza ku bintu ebiribaawo, era oyo abikkula ebigambo ebitategeerekeka bantu abaabulijjo, yakulaze ebigenda okubaawo. Naye ekigambo kino ekitategeerekeka bantu abaabulijjo kimbikkuliddwa, silwa kuba nga ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna, naye nkifunye bwe ntyo, kabaka ategeere amakulu gaakyo, era otegeere ebirowoozo bye wafuna mu mutima gwo.

Awo Nebukadduneeza ne yeeyongera okusunguwalira Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nʼamaaso ge ne gaba masunguwavu nnyo ngʼajjudde obuswandi. Nʼalagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okusinga ne bwe kyali kyase. Nʼalagira abamu ku baserikale be abʼamaanyi okusiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nʼoluvannyuma basuulibwe mu kikoomi ekyaka omuliro. Amangwago ne basiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nga bambadde ebyambalo byabwe ebyʼekitiibwa, ne seruwale zaabwe, nʼeminagiro gyabwe nʼengoye zaabwe endala, ne basuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro. Olwʼokubanga ekiragiro kya kabaka kyali kya mbagirawo nga nʼekyoto kyaka nnyo nnyini, ennimi ezʼomuliro ne zitta abasajja abaasitula Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego. Awo abasajja abo abasatu Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka omuliro nga basibiddwa. Awo Kabaka Nebukadduneeza, mu kwewuunya nʼagolokoka mangu nʼabuuza abakungu be nti, “Mu muliro tetwasuddemu abasajja basatu nga basibiddwa?” Ne bamuddamu nti, “Bwe kyabadde, ayi kabaka.” Nʼayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so nʼowookuna ngʼafaanana ngʼomwana wa bakatonda.” Nebukadduneeza nʼalyoka asembera ku mulyango gwʼekikoomi ekyaka omuliro, nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego, abaddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, mufulume mujje wano.” Awo Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne bava mu muliro. Abaamasaza, nʼabemiruka, nʼabafuzi abʼebitundu, nʼabakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ngʼomuliro tegubookezza, so nʼenviiri zaabwe nga tezisiridde, so nʼengoye zaabwe nga tezookeddwa, so nʼolusu lwʼomuliro nga terubawunyako. Nebukadduneeza nʼayogera nti, “Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we nʼalokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo. Noolwekyo nteeka etteeka nga buli muntu owʼeggwanga lyonna, na buli muntu owʼolulimi lwonna olwa buli ngeri alyogera obubi ku Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, alitemebwatemebwa, nʼennyumba ye erimenyebwamenyebwa, kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.” Awo kabaka nʼakuza Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego mu ssaza eryʼe Babulooni.

Kabaka Nebukadduneeza nʼalangirira eri abantu, nʼamawanga nʼabantu abʼennimi eza buli ngeri, mu nsi yonna bwʼati nti: Emirembe gibeere nammwe! Lye ssanyu lyange okubategeeza ku bigambo ebyʼamagero era ebikulu Katonda Ali Waggulu Ennyo byankoledde. Obubonero bwe nga bukulu, nʼebyʼamagero bye nga byewuunyisa! Obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe; Nʼokufuga kwe tekuliggwaawo.

Mu kiseera ekyo ne walabika engalo zʼomukono gwʼomuntu ne ziwandiika ku kisenge okuliraana ettaala mu lubiri lwa kabaka; kabaka nʼalaba ekibatu kyʼomukono nga kiwandiika. Entunula ye nʼekyuka, nʼatya nnyo, nʼamaviivi ge ne gakubagana nʼamagulu ge ne galemererwa okumuwanirira.

Awo kabaka nʼalagira, Danyeri nʼaleetebwa, nʼasuulibwa mu mpuku yʼempologoma. Kabaka nʼagamba Danyeri nti, “Nkusabira eri Katonda wo, gwʼoweereza bulijjo akulokole!” Ne baleeta ejjinja ne baliteeka ku mulyango gwʼempuku, kabaka nʼalissaako akabonero ke ye, nʼabakungu be ne balissaako obubonero bwabwe, ekigambo kyonna kireme okukyusibwa ku nsonga ya Danyeri. Awo kabaka nʼaddayo mu lubiri lwe, naye nʼatalya kintu na kimu ekiro ekyo, era nʼatakkiriza kusanyusibwa, nʼotulo ne tumubula. Ku makya ennyo emambya ngʼesaze, kabaka nʼagolokoka nʼayanguwa okugenda ku mpuku eyʼempologoma. Bwe yasembera okumpi ne Danyeri we yali, nʼamukoowoola mu ddoboozi eryʼennaku ngʼagamba nti, “Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gwʼoweereza bulijjo akuwonyezza empologoma?” Danyeri nʼaddamu nti, “Wangaala, ayi kabaka. Katonda wange yatumye malayika we, nʼaziba emimwa gyʼempologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.” Kabaka nʼasanyuka nnyo nʼalagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri nʼaggyibwa mu mpuku, nʼatasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we. Awo amangwago kabaka nʼalagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku yʼempologoma, wamu ne bakyala baabwe nʼabaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo yʼempuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.

Awo kabaka Daliyo nʼawandiikira abantu bonna, nʼamawanga gonna nʼabantu abʼennimi zonna mu nsi yonna nti, “Emirembe gibeere gye muli!” “Nteeka etteeka mu buli kitundu kyʼobwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya nʼokussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa.” “Kubanga ye Katonda omulamu, abeerera emirembe gyonna; nʼobwakabaka bwe tebuliggwaawo, nʼokufuga kwe tekulikoma. Alokola era awonya: akola obubonero nʼebyamagero mu ggulu ne ku nsi. Yalokodde Danyeri mu mannyo gʼempologoma.”

“Awo olulituuka oluvannyuma lwʼebyo, ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza ebyʼomu maaso; abakadde baliroota ebirooto, nʼabavubuka bammwe balyolesebwa. Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja nʼabakazi. Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu ne ku nsi: omusaayi nʼomuliro nʼekikoomi ekyʼomukka. Enjuba erifuuka ekizikiza, nʼomwezi gulimyuka ngʼomusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olwʼentiisa nga terunnatuuka.

Yesu nʼabuna wonna mu Ggaliraaya ngʼayigiriza mu makuŋŋaaniro gʼAbayudaaya ngʼabuulira Enjiri eyʼobwakabaka obwʼomu ggulu, era ngʼawonya buli ndwadde yonna nʼobuyongobevu bwonna mu bantu. Amawulire agʼebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, nʼabalina ebibabonyaabonya, nʼabʼensimbu nʼabo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye nʼabʼendwadde endala ezitali zimu, bonna nʼabawonya.

Omusajja omugenge nʼajja gyʼali nʼamuvuunamira ngʼagamba nti, “Mukama wange, bwʼobanga oyagala oyinza okunnongoosa.” Yesu nʼagolola omukono gwe nʼamukwatako nʼamugamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago omusajja nʼawona ebigenge.

Awo Yesu bwe yayingira mu maka ga Peetero yasanga nnyina wa muka Peetero alwadde omusujja mungi, ngʼagalamidde ku kitanda. Yesu nʼamukwata ku mukono omusujja ne gumuwonako, nʼagolokoka nʼamuweereza.

Obudde bwe bwawungeera, ne bamuleetera abalwadde bangi abaaliko baddayimooni. Nʼayogera bwogezi kigambo baddayimooni nʼabagoba, era nʼawonya nʼabalala bonna abaali balwadde. Bwe kityo ekigambo ekyayogerebwa mu nnabbi Isaaya ne kituukirira bwe yagamba nti: “Yatuwonya endwadde zaffe, era nʼatwala obunafu bwaffe.”

Awo omuyaga mungi ogwʼamaanyi ne gujja ku nnyanja, amayengo amagulumivu ne gaba kumpi okubuutikira eryato. Naye yali yeebase. Abayigirizwa be ne bajja gyʼali ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Mukama waffe, tulokole, tusaanawo!” Yesu nʼabaddamu nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?” Nʼagolokoka nʼaboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja nʼeteeka. Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, “Muntu ki ono, omuyaga nʼennyanja gwe biwulira?”

Awo bwe yatuuka emitala wʼeri mu nsi yʼAbagadaleni, abasajja babiri abaaliko baddayimooni ne bava mu malaalo ne bajja gyʼali. Baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo. Ne bawowoggana nnyo nti, “Otwagaza ki, ggwe Omwana wa Katonda! Ojjidde ki okutubonyaabonya ngʼekiseera kyaffe tekinnaba kutuuka?” Walako ne we baali waaliwo eggana lyʼembizzi nga zirya, baddayimooni ne basaba Yesu nti, “Obanga ogenda kutogoba ku bantu bano, tusindike mu ggana lyʼembizzi.” Yesu nʼagamba baddayimooni nti, “Kale, mugende.” Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo. Naye abaali balunda embizzi ne badduka ne bagenda mu kibuga ne babuulira abantu byonna ebibaddewo, nʼebyʼabasajja abaaliko baddayimooni. Abantu bʼomu kibuga bonna ne bafuluma okujja okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba ne bamwegayirira abaviire mu kitundu kyabwe.

Amangwago ne bamuleetera omuntu eyali akoozimbye nga bamusitulidde ku katanda. Bwe yalaba okukkiriza kwabwe nʼagamba omulwadde nti, “Mwana wange, guma omwoyo, nkusonyiye ebibi byo!” Naye waaliwo abamu ku bannyonnyozi bʼamateeka ne boogeraganya bokka na bokka nti, “Omuntu ono avvoola! Alowooza nti Ye Katonda!” Yesu nʼamanya bye balowooza. Nʼabagamba nti, “Lwaki mubeera nʼebirowoozo ebibi mu mitima gyammwe? Ekyo buli muntu ayinza okukyogera, kubanga kwogera bwogezi. Naye mutegeere nga Omwana wʼOmuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo nʼagamba akoozimbye nti, “Yimirira weetikke akatanda ko, weddireyo ewammwe!” Nʼayimirira ngʼawonye, ne yeddirayo eka. Naye abantu abaali mu bibiina bwe baalaba ekyamagero kino ne beewuunya nnyo! Ne bagulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkaniddaawo!

Omukazi eyali alwadde ekikulukuto kyʼomusaayi, okumala emyaka kkumi nʼebiri, nʼajja emabega we nʼakoma ku kyambalo kye. Kubanga yʼagamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.” Yesu nʼakyuka nʼalaba omukazi nʼamugamba nti, “Muwala, guma omwoyo! Owonye olwʼokukkiriza kwo.” Omukazi nʼawonera mu kiseera ekyo.

Awo Yesu bwe yatuuka mu maka gʼomufuzi nʼasanga abafuuyi bʼamakondeere nʼekibiina nga kijagaladde, nʼagamba nti, “Mufulume kubanga omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi.” Bonna ne bamusekerera nga bwe beesooza. Naye abantu bwe bamala okufuluma, Yesu nʼayingira, nʼakwata omukono gwʼomuwala, nʼagolokosa omuwala. Ebigambo ebyo ne bibuna mu kitundu ekyo kyonna.

Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe bʼamaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!” Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja wʼali. Yesu nʼababuuza nti, “Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo, Mukama waffe.” Awo nʼakoma ku maaso gaabwe nʼabagamba nti, “Kale, olwʼokukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa.” Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu nʼabakuutira nnyo baleme kubuulirako muntu yenna. Naye bwe baava awo, ne bagenda nga basaasaanya ebigambo ebyo, nga babuulira buli muntu gwe baasisinkananga mu kitundu ekyo.

Awo Yesu ne be yali nabo, bwe baali bafuluma ne bamuleetera kiggala eyali tayogera kubanga yaliko dayimooni. Yesu nʼamugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala nʼayogera. Abantu bonna ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, “Kino tekibangawo mu Isirayiri.”

Yesu nʼagenda ngʼayita mu bibuga byonna ebyʼomu kitundu ekyo, ne mu byalo ngʼayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ngʼabuulira Enjiri eyʼobwakabaka. Era buli we yatuukanga nʼawonya abalwadde nʼabakoozimbye bonna.

Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri, ne bajja gyʼali nʼabawa obuyinza okugobanga baddayimooni, nʼokuwonyanga buli ndwadde nʼokukozimba ebya buli ngeri.

Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.

Abazibe bʼamaaso balaba, nʼabalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, nʼabafu bazuukizibwa nʼabaavu babuulirwa Enjiri.

Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti. Baali basuubira nti Anaddamu nti Kituufu, balyoke bamuwawaabire. Naye nʼabaddamu nti, “Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ngʼalina endiga emu, nʼegwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu? Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti.” Bwʼatyo nʼagamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Nʼagugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo!

Naye Yesu bwe yakimanya nʼafuluma mu kuŋŋaaniro, abantu bangi nnyo ne bamugoberera, nʼawonya abaali abalwadde bonna,

Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe wʼamaaso era nga tayogera. Nʼamuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera nʼasobola okwogera nʼokulaba. Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, “Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?”

Naye bwe mba ngoba baddayimooni nʼamaanyi gʼOmwoyo wa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.

Era yakolerayo ebyamagero bitono olwʼobutakkiriza bwabwe.

Yesu bwe yava eyo nʼalaba, abantu bangi nʼabasaasira nʼawonya abalwadde baabwe.

Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gyʼali ne bamugamba nti, “Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga.” Naye Yesu nʼabaddamu nti, “Tekyetaagisa kubasiibula, mmwe mubawe ekyokulya.” Ne bamuddamu nti, “Ffe tetulina kyakulya kiyinza kubamala, wabula tulinawo emigaati etaano gyokka nʼebyennyanja bibiri.” Nʼabagamba nti, “Kale mubindetere wano.” Nʼalagira ekibiina kituule wansi ku muddo, nʼaddira emigaati etaano nʼebyennyanja ebibiri, nʼatunula waggulu ne yeebaza, emigaati nʼagimenyaamenyamu nʼagiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina. Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri! Abantu bonna abaalya baali ngʼenkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana.

Awo ku ssaawa nga mwenda ezʼekiro, Yesu nʼajja gye bali ngʼatambula ku nnyanja. Naye abayigirizwa bwe baamulaba ngʼatambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu. Awo amangwago Yesu nʼabagamba nti, “Mugume, Nze nzuuno temutya.”

Peetero nʼamugamba nti, “Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gyʼoli nga ntambulira ku mazzi.” Yesu nʼamuddamu nti, “Kale jjangu.” Peetero nʼava mu lyato nʼatambulira ku mazzi okugenda eri Yesu. Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogwʼamaanyi, nʼatya nʼatandika okusaanawo, nʼakoowoola Yesu nti, “Mukama wange, ndokola!” Amangwago Yesu nʼagolola omukono gwe nʼamukwata, nʼamugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?” Bwe baalinnya mu lyato omuyaga gwonna ne guggwaawo. Nʼabo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!”

Abantu bʼomu kitundu ekyo bwe baamutegeera ne batumya abalwadde bonna ne babamuleetera. Ne bamwegayirira waakiri bakomeko bukomi ku lukugiro lwʼekyambalo kye, era buli eyakomako nʼawonyezebwa.

Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, nʼajja eri Yesu nʼamwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.” Naye Yesu nʼasirika nʼatamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bwʼomugoba nʼagenda. Ngʼayitirizza okutukaabirira.” Naye Yesu nʼaddamu omukazi nti, “Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula.” Naye omukazi nʼasembera awali Yesu nʼamusinza, nʼamwegayirira ngʼagamba nti, “Mukama wange, nnyamba.” Yesu nʼamuddamu nti, “Si kituufu okuddira emmere yʼabaana okugisuulira embwa.” Omukazi nʼaddamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye nʼembwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.” Awo Yesu nʼamugamba nti, “Mukazi watu, ngʼokukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bwʼoyagala.” Amangwago muwala we nʼawonera mu kiseera ekyo.

Abantu bangi ne bajja gyʼali, ne bamuleetera, abakoozimbye, nʼabatayogera nʼabalala bangi ne babassa we yali nʼabawonya. Abantu bangi ne beewuunya, nga balaba ababadde batayogera nga boogera, nʼababadde bakoozimbye nga bawonye, nʼababadde abalema nga batambula, nʼababadde abazibe bʼamaaso nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.

Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be nʼabagamba nti, “Abantu bano mbasaasira, kubanga baakamala nange ennaku ssatu ate tebalina kyakulya. Ssaagala kubasiibula ne bagenda enjala, si kulwa nga bagwa ku kkubo.” Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Wano mu ddungu tunaggya wa emigaati emingi gye tunaaliisa abantu abangi bwe bati?” Yesu nʼababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamuddamu nti, “Tulinawo emigaati musanvu nʼebyennyanja bitono.” Yesu nʼalagira abantu bonna batuule wansi, nʼaddira emigaati omusanvu nʼebyennyanja, bwe yamala okwebaza, nʼabimenyaamenyamu, nʼawa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina. Buli muntu nʼalya nʼakkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu. Abaalya baawera abasajja enkumi nnya nga totaddeeko bakazi na baana.

Nʼafuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ngʼenjuba nʼebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana.

Awo bwe yatuuka awaali ekibiina, omusajja nʼajja gyʼali nʼafukamira we yali, nʼamugamba nti, “Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi. Bwe namuleese eri abayigirizwa bo tebasobodde kumuwonya.” Yesu nʼaddamu nti, “Mmwe omulembe ogutalina kukkiriza omubi. Ndituusa ddi okubeera nammwe? Ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Kale mumundeetere wano.” Yesu nʼaboggolera dayimooni, nʼava ku mulenzi, omulenzi nʼawona mu kiseera ekyo.

Awo oluvannyuma abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama ne bamubuuza nti, “Ffe lwaki tetwasobodde kugoba dayimooni oyo?” Yesu nʼabaddamu nti, “Olwʼokukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba nʼokukkiriza okufaanana ngʼakaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa.

“Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja kyʼonoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri, ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange nʼogugwo.”

“Ddala ddala mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa. “Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”

Yesu nʼabatunuulira, nʼabaddamu nti, “Mu buntu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna.”

Abazibe bʼamaaso babiri abaali batudde ku mabbali gʼekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusaasire!” Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire.” Yesu bwe yabatuukako nʼayimirira nʼababuuza nti, “Mwagala mbakolere ki?” Ne bamuddamu nti, “Mukama waffe, twagala otuzibule amaaso.” Yesu nʼabasaasira nʼakwata ku maaso gaabwe amangwago ne gazibuka, ne bamugoberera.

Awo abazibe bʼamaaso nʼabalema ne bajja gyʼali mu Yeekaalu nʼabawonya.

nʼalengera omutiini ku mabbali gʼekkubo, nʼagutuukako nʼatasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. Nʼagugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka. Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?” Yesu nʼabaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwʼoba nʼokukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino nʼebisingawo. Oyinza nʼokulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo. Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”

Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ngʼokwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu nʼayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gwʼentaana, nʼalituulako.

wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa. Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era agenda Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”

Awo Yesu nʼasemberera abayigirizwa be nʼabategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.

Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, nʼawowoggana, ngʼagamba nti “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.” Awo Yesu nʼaguboggolera ngʼagamba nti, “Sirika era muveeko.” Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako. Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So nʼemyoyo emibi agiragira ne gimugondera.” Amangwago amawulire agamukwatako ne gasaasaana wonna mu byalo ebyetoolodde Ggaliraaya.

Amangwago ne bava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda mu nnyumba ya Simooni ne Andereya nga bali ne Yakobo ne Yokaana. Ne basanga nga nnyina muka Simooni agalamidde mulwadde omusujja. Amangwago ne bakitegeeza Yesu. Bwe yamusemberera, nʼamukwata ku mukono nʼamuyimusa, omusujja ne gumuwonako, nʼabaweereza!

Awo obudde bwe bwali buwungeera, ngʼenjuba egwa, ne bamuleetera abalwadde bonna, nʼabaaliko dayimooni. Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku luggi. Era Yesu nʼawonya abalwadde bangi abaalina endwadde ezʼenjawulo era nʼabaaliko baddayimooni bangi nʼababagobako, ne baddayimooni teyabaganya kwogera, kubanga baali bamumanyi.

Awo nʼabuulira mu makuŋŋaaniro agʼomu kitundu kyonna ekyʼe Ggaliraaya, era nʼagoba ne baddayimooni.

Awo omugenge nʼajja eri Yesu ne yeegayirira ngʼafukamidde mu maaso ge, nʼamugamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okunnongoosa.” Yesu nʼamusaasira, nʼagolola omukono gwe, nʼamukwatako, nʼamugamba nti, “Nsiimye, longooka!” Amangwago ebigenge ne bimuwonako, nʼaba mulongoofu. Awo Yesu nʼamukuutira nnyo nʼamusiibula, ngʼagamba nti, “Kino tokibuulirako muntu nʼomu, wabula genda weeyanjule eri kabona, oweeyo nʼekirabo Musa kye yalagira okuweebwangayo, okuba obujulirwa gye bali.” Naye omusajja nʼatandika okwogera ku ebyo ebyamubaako, nʼokubibunyisa. Yesu nʼatasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, naye nʼabeeranga mu bifo ebyekusifu. Abantu ne bajjanga gyʼali okuva mu njuyi zonna.

Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ngʼasituliddwa abasajja bana. Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olwʼekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ngʼali ku katanda ke. Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, nʼagamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.” Naye abamu ku bannyonnyozi bʼamateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti, “Ono ayinza atya okwogera bwʼatyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?” Amangwago Yesu nʼamanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka nʼababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe? Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule? Naye mmwe okusobola okutegeera ngʼOmwana wʼOmuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” nʼagamba eyali akoozimbye nti, “Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.” Awo omusajja nʼasituka, amangwago nʼasitula akatanda ke nʼafuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”

Awo Yesu nʼayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze. Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire. Yesu nʼagamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati.” Nʼabagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?” Naye ne batamuddamu. Yesu nʼabatunuulira ngʼakambuwadde era nga munakuwavu nnyo olwʼobukakanyavu bwʼemitima gyabwe, nʼagamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Nʼagolola omukono gwe, ne guwona.

Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olwʼendwadde zaabwe. Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye nʼagikomako gireme okumwatuukiriza.

Nʼalonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. Nʼabawa nʼobuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi nʼababiri be yalonda be bano:

Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta nʼamayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi. Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?” Nʼazuukuka nʼaboggolera omuyaga nʼagamba ennyanja nti, “Tteeka, sirika.” Omuyaga ne gusirika nʼennyanja nʼeteekera ddala. Nʼababuuza nti, “Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?” Ne batya nnyo, ne bagambagana nti, “Ono ye ani, embuyaga nʼennyanja gwe bigondera?”

Yesu bwe yali yaakava mu lyato omuntu eyaliko omwoyo omubi nʼajja gyʼali ngʼava mu malaalo. Omuntu ono yasulanga mu malaalo era yali alaluse nnyo nga tewakyali na muntu asobola kumusiba. Emirundi mingi baagezangako okumussa ku mpingu nʼokusiba amagulu ge nʼenjegere naye byonna ngʼabikutulakutula. Ne wataba na muntu wʼamaanyi ayinza kumusiba kumunyweza. Naye bulijjo yatambulanga emisana nʼekiro mu malaalo ne mu nsozi. Yawowoggananga nga bwʼakaaba era nga bwe yeesalaasala nʼamayinja. Awo bwe yalengera Yesu ngʼakyali walako ku nnyanja nʼadduka nʼagenda eryato we lyagoba, nʼasinza Yesu. Nʼaleekaana nnyo nti, “Onjagaza ki, ggwe Yesu, Omwana wa Katonda, Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayirira, olwʼekisa kya Katonda, tombonyaabonya.” Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi okuva ku musajja. Awo Yesu nʼamubuuza nti, “Erinnya lyo ggwʼani?” Nʼaddamu nti, “Erinnya lyange nze Ligyoni, kubanga tuli bangi.” Nʼamwegayirira nnyo aleme okumugoba mu kitundu ekyo. Awo waaliwo eggana lyʼembizzi nnyingi nnyo ku lusozi nga zirya. Omwoyo omubi ne gwegayirira Yesu nti, “Tusindike mu mbizzi ziri.” Yesu nʼabakkiriza, ne bava ku musajja ne bayingira mu ggana lyʼembizzi. Awo eggana lyʼembizzi lyonna ne liserengetera ku kagulungujjo ne lyeyiwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo. Awo abaali bazirunda ne badduka mangu ne bagenda bategeeze abʼomu kibuga ne mu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddewo. Ekibiina kyʼabantu ne kikuŋŋaana awali Yesu, naye bwe baalaba omusajja eyaliko ligyoni ngʼayambadde bulungi era ngʼategeera bulungi, ne batya nnyo. Abo abaaliwo ne babategeeza ebyatuuka ku musajja eyaliko omwoyo omubi nʼebyatuuka ku mbizzi. Awo abantu ne batandika okwegayirira Yesu abaviire!

Mu kibiina omwo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi nʼebiri nga mulwadde ekikulukuto kyʼomusaayi. Yali yeewuubye mu basawo bangi abaamujanjabanga okumala emyaka egyo gyonna; ne byonna bye yalina nga bimuweddeko, obulwadde ne butawona wabula okweyongera obweyongezi. Yali awulidde ebikwata ku Yesu. Bwʼatyo nʼajja nga yeenyigiriza mu kibiina kyʼabantu nʼatuuka emabega wa Yesu, nʼakoma ku kyambalo kye. Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nzija kuwona.” Awo olwakikomako, amangwago ekikulukuto kyʼomusaayi ne kikalira nʼategeerera ddala ngʼawonye. Amangwago Yesu nʼawulira ngʼamaanyi agamuvuddemu, nʼakyukira ekibiina kyʼabantu nʼabuuza nti, “Ani akutte ku kyambalo kyange?” Naye abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Ku bantu abangi bati abakunyigiriza oyinza otya okubuuza nti Ani ankutteko?” Naye Yesu ne yeetoolooza amaaso ge mu bonna alabe oyo amukutteko. Awo omukazi bwe yategeera ekituuseewo nʼajja eri Yesu ngʼatidde nnyo era ngʼakankana, nʼagwa ku bigere bya Yesu nʼamutegeeza amazima gonna. Yesu nʼagamba omukazi nti, “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe obulwadde bwo buwonedde ddala.”

Naye yali akyayogera nʼomukazi ababaka ne batuuka nga bava mu maka ga Yayiro ne bamubikira nti, “Omuwala afudde, noolwekyo tekikyetaagisa kuteganya Muyigiriza.” Yesu nʼawulira ebigambo ebyayogerwa wabula nʼagamba omukulu wʼekkuŋŋaaniro nti, “Totya, ggwe kkiriza bukkiriza.” Awo Yesu nʼaziyiza ekibiina kyonna okugenda naye, okuggyako Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda wa Yakobo. Bwe baatuuka mu nju yʼomukulu wʼekkuŋŋaaniro, nʼalaba okwaziirana ngʼabantu bakaaba nga bakuba ebiwoobe. Bwe yayingira mu nju nʼagamba abantu nti, “Mwaziiranira ki nʼokukuba ebiwoobe? Omwana tafudde naye yeebase bwebasi!” Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo. Naye nʼabagamba bonna bafulume mu nju. Nʼatwala abazadde bʼomwana nʼabayigirizwa be abasatu nʼayingira nabo mu kisenge omwana mwe yali. Yesu nʼakwata omwana ku mukono nʼamugamba nti, “Talisa kumi!” amakulu nti, “Omuwala golokoka!” Amangwago omuwala eyali aweza emyaka kkumi nʼebiri, nʼayimirira nʼatambulatambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo.

Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka nʼagenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bwʼayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, “Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa nʼebyʼamagero ebyenkanidde wano byʼakola?”

Naye teyakolerayo byamagero binene okuggyako abalwadde abatonotono be yakwatako nʼabawonya.

Awo Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri nʼabatuma babiri babiri era nʼabawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.

Ne bagoba baddayimooni bangi ku bantu, ne basiiga abalwadde amafuta ne babawonya.

Awo obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, “Ekifo kino kya ddungu ate nʼobudde buwungedde. Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano.” Naye Yesu nʼabaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya.” Ne bamubuuza nti, “Tugende tubagulire emmere nga ya dinaali ebikumi bibiri, tugibawe balye?” Yesu nʼababuuza nti, “Mulina emigaati emeka? Mugende mulabe.” Bwe baamala okwetegereza ne bamugamba nti, “Waliwo emigaati etaano nʼebyennyanja bibiri.” Awo Yesu nʼalagira abantu bonna batuule wansi ku muddo mu bibinja. Awo ne batuula mu bibinja, ebyʼabantu ataano ataano, awalala kikumi kikumi. Yesu nʼatoola emigaati etaano nʼebyennyanja ebibiri nʼayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. Nʼamenyaamenya emigaati nʼebyennyanja ebibiri, nʼabiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna. Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bwʼemigaati nʼobwʼebyennyanja ebibbo kkumi na bibiri. Abasajja abaalya emigaati baali enkumi ttaano.

nʼabalengera nga bategana nʼeryato kubanga waaliwo omuyaga mungi nʼamayengo amagulumivu ebyabafuluma mu maaso gye baali balaga. Awo obudde bwali bunaatera okukya nga ku ssaawa mwenda ezʼekiro, nʼajja gye bali ngʼatambulira ku mazzi, nʼaba ngʼayagala okubayitako. Naye bwe baamulaba ngʼatambulira ku nnyanja ne baleekaana nnyo, bonna, nga batidde, kubanga baalowooza nti muzimu, kubanga bonna baamulaba ne batya. Naye nʼayanguwa okwogera nabo, nʼabagamba nti, “Mugume omwoyo. Ye Nze, temutya.” Awo nʼalinnya mu lyato, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo.

ne bavaamu. Abantu bwe balaba Yesu, amangwago ne bamutegeererawo. Ne babuna mu bitundu ebyali biriraanyeewo nga bamuleetera abalwadde nga basituliddwa ku butanda. Wonna wonna gye yagendanga, mu byalo, mu bibuga, mu butale ne ku nguudo ne baleeta abalwadde ne bamwegayirira waakiri bakwateko bukwasi ku lukugiro lwʼekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako ne bawona.

Awo Yesu nʼalaga mu bitundu byʼe Ttuulo, nʼatayagala kitegeerekeke nti Ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka. Omukazi eyalina muwala we ngʼaliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, nʼajja eri Yesu, nʼagwa ku bigere bye. Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, nʼamwegayirira agobe dayimooni ku mwana we. Yesu nʼagamba omukazi nti, “Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere yʼomwana nʼekasukirwa embwa.” Naye omukazi nʼamuddamu nti, “Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era nʼembwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani zʼabaana.” Yesu nʼamugamba nti, “Olwʼekigambo ekyo, weddireyo eka, kubanga dayimooni avudde ku muwala wo.” Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.

Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu wʼamatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye. Yesu nʼaggya omusajja mu bantu nʼamulaza wabbali, nʼassa engalo ze mu matu gʼomusajja; nʼawanda amalusu, nʼagasiiga nʼolunwe lwe ku lulimi lwʼomusajja. Awo Yesu nʼatunula waggulu nʼassa ekikkowe, nʼalyoka alagira omusajja nti, “Efasa!” ekitegeeza nti, “Gguka.” Amangwago amatu gʼomusajja ne gagguka nʼawulira buli kintu era nʼayogera bulungi! Yesu nʼakuutira ekibiina baleme kutegeezaako balala ku bigambo ebyo okubisaasaanya, naye bo ne beeyongera okutegeeza. Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, “Buli kyʼakola kya kyewuunyo, aggula nʼamatu ga bakiggala nʼayogeza ne bakasiru!”

Mu biseera ebyo, ebibiina ne byeyongera obunene nate, abantu emmere nʼebaggwaako. Yesu nʼayita abayigirizwa be nʼabagamba nti, “Abantu bano bankwasa ekisa, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, naye tebalina kyakulya. Singa mbasiibula baddeyo ewaabwe nga tebalidde, enjala ejja kubasuula ku kkubo! Ate abamu bava wala.” Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Emmere tunaagiggya wa wano mu ddungu eneemala abantu bano bonna?” Yesu nʼababuuza nti, “Mulina wo emigaati emeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.” Awo Yesu nʼalagira abantu batuule wansi. Nʼaddira emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, nʼagimenyaamenyamu, nʼagiwa abayigirizwa be ne bagitwalira ekibiina ne babagabula. Era baalina wo nʼebyennyanja bitono, nabyo Yesu nʼabiwa omukisa nʼagamba abayigirizwa be babigabule abantu. Abantu bonna ne balya okutuusa lwe bakkuta, ne bakuŋŋaanya ebyabalema ebisero musanvu ebijjudde. Mu kibiina ekyo mwalimu abantu ngʼenkumi nnya. Nʼabasiibula.

Awo bwe baatuuka mu Besusayida, ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe wʼamaaso, ne bamwegayirira amukwateko. Yesu nʼakwata omuzibe wʼamaaso ku mukono nʼamufulumya ebweru wʼakabuga ako. Nʼawanda amalusu ku maaso gʼomusajja nʼagakwatako, nʼamubuuza nti, “Kaakano waliwo kyʼolaba?” Omusajja nʼamagamaga, nʼaddamu nti, “Yee! Ndaba abantu kyokka balabika ngʼemiti egitambula.” Yesu nʼayongera okukwata ku maaso gʼomusajja, omusajja nʼazibuka amaaso nʼawonera ddala buli kintu nʼakiraba bulungi.

Bwe waayitawo ennaku mukaaga Yesu nʼatwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana nʼabakulembera ne bagenda ku ntikko yʼolusozi oluwanvu ne babeera eyo bokka. Amangwago nʼafuusibwa nga balaba, ebyambalo bye ne byeruka nnyo, nga tewali muntu ku nsi asobola kubyoza kubituusa awo!

Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo nʼagamba nti, “Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi. Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, nʼabimba ejjovu ku mimwa nʼaluma amannyo, olwo yenna nʼakakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa.” Yesu nʼagamba nti, “Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano.” Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bwʼabimba nʼejjovu ku mimwa. Yesu nʼabuuza kitaawe wʼomwana nti, “Kino kimaze bbanga ki?” Kitaawe nʼaddamu nti, “Okuviira ddala mu buto. Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina kyʼosobola okutukolera, tusaasire.” Yesu nʼamuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.” Amangwago Kitaawe wʼomwana nʼayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!” Yesu bwe yalaba ngʼekibiina kyeyongera obunene, nʼaboggolera dayimooni nti, “Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gwʼamatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga.” Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako nʼaba ngʼafudde, bangi ne balowooza nti afudde. Naye Yesu nʼamukwata ku mukono nʼamuyimiriza.

Yesu nʼabatunuulira enkaliriza nʼabagamba nti, “Eri abantu tekisoboka nʼakatono. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”

Awo Yesu nʼabayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe wʼamaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali gʼoluguudo. Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, nʼatandika okuleekaana nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!” Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, “Sirika! Totuleekaanira!” Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ngʼaddiŋŋana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!” Yesu nʼayimirira nʼayogera nti, “Mumuyite.” Ne bayita omuzibe wʼamaaso nti, “Guma omwoyo, situka akuyita!” Battimaayo nʼasuula eri ekikooti kye, nʼasituka mangu nʼajja eri Yesu. Yesu nʼamubuuza nti, “Oyagala nkukolere ki?” Omuzibe wʼamaaso nʼaddamu nti, “Ayi Omuyigiriza, njagala nsobole okulaba!” Awo Yesu nʼamugamba nti, “Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangwago omusajja nʼazibuka amaaso, nʼagoberera Yesu.

Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Mukkiririze mu Katonda. Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, ‘Situka ogwe mu nnyanja,’ nʼatabuusabuusa mu mutima gwe, naye nʼaba nʼokukkiriza, kyʼayogedde kirituukirira. Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli.

Naye nʼabagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa.

Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya. Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.”

Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, nʼatwalibwa mu ggulu nʼatuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama nʼabeeranga nabo, nʼanywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ngʼabakozesanga ebyʼamagero.

Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.”

Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko dayimooni nʼatandika okuwowoggana nti, “Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu owʼe Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.” Yesu nʼamuboggolera ngʼagamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni nʼasuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, nʼamuvaako nga tamulumizza. Buli muntu nʼatya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira nʼobuyinza nʼamaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.” Amawulire agakwata ku Yesu ne gabuna mu kitundu ekyo kyonna ekyetoolodde awo.

Awo Yesu bwe yava mu kkuŋŋaaniro, nʼalaga mu maka ga Simooni. Yasanga nnyina mukazi wa Simooni omusujja gumuluma nnyo, abantu ne bamwegayiririra ku lulwe. Yesu nʼayimirira okumpi nʼomulwadde we yali, nʼalagira omusujja gumuwoneko, amangwago omulwadde nʼawona, nʼasituka nʼabaweereza!

Obudde bwe bwali buwungeera, abantu bonna abaalina abalwadde abʼendwadde eza buli ngeri, ne babaleeta eri Yesu, nʼabassaako emikono buli omu nʼamuwonya. Abamu baaliko baddayimooni, Yesu nʼabalagira ne bava ku balwadde nga bwe baleekaana nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye kubanga baamumanya nga ye Kristo, nʼatabaganya kukyogerako.

Bwe yamala okuyigiriza nʼagamba Simooni nti, “Kale kaakano sembeza eryato lyo ebuziba, mu mazzi amangi, musuule obutimba bwammwe mu nnyanja, mujja kukwasa ebyennyanja bingi!” Simooni nʼaddamu nti, “Mukama waffe, twateganye dda ekiro kyonna, naye ne tutakwasa kantu. Naye ggwe nga bwʼotugambye, nzija kusuula obutimba.” Awo bwe baakola bwe batyo, obutimba bwabwe bwajjula ebyennyanja, ne butandika nʼokukutuka. Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato liri eddala bajje babayambe, ne bajja, amaato gombi ne gajjula ebyennyanja, ne gajula nʼokusaanawo. Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, nʼafukamira mu maaso ga Yesu nʼamugamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo.” Kubanga obungi bwʼebyennyanja bye baakwasa bwa muwuniikirizza nnyo awamu ne banne bwe baavubanga,

Mu kibuga Yesu mwe yali akyadde mwalimu omusajja eyali alwadde ebigenge. Bwe yalaba Yesu nʼavuunama mu maaso ge, nʼamwegayirira nti, “Mukama wange, bwʼoba ngʼoyagala, oyinza okunnongoosa.” Yesu nʼagolola omukono gwe nʼamukwatako, ngʼagamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago ebigenge byʼomusajja ne bimuwonako. Yesu nʼalagira omusajja nti, “Tobaako muntu nʼomu gwʼogamba, naye genda weeyanjule eri kabona oweeyo ekiweebwayo olwʼokulongosebwa nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.” Naye ne yeeyongera bweyongezi okubunya ettutumu lyʼobuyinza bwa Yesu era ebibiina binene ne bikuŋŋaana okumuwulira nʼokuwonyezebwa endwadde zaabwe.

Lwali lumu Yesu yali ayigiriza abakulembeze bʼAbayudaaya, nʼabannyonnyozi bʼamateeka nabo nga batudde awo, abaali bavudde mu buli kyalo ekyʼe Ggaliraaya ne Buyudaaya era nʼe Yerusaalemi. Amaanyi ga Mukama gaali ku ye okuwonya. Awo abasajja ne bajja nga basitudde omusajja ku katanda eyali akoozimbye. Ne bagezaako okumuyingiza okumuleeta Yesu we yali. Naye bwe bataasobola kumuyingiza olwʼekibiina ekinene ne balinnya waggulu ku kasolya, ne baggyawo ku mategula ne bayisaamu omulwadde ne bamussa ngʼagalamidde ku katanda ke ne baamutereereza ddala mu maaso ga Yesu. Awo Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, nʼagamba omusajja akoozimbye nti, “Omusajja, ebibi byo bikusonyiyiddwa.” Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani avvoola! Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?” Nate Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, nʼababuuza nti, “Lwaki mulowooza bwe mutyo mu mutima gwammwe? Ekyangu kye kiri wa? Okwogera nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti situka otambule? Naye mulyoke mutegeere nti, Omwana wʼOmuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Nʼagamba eyali akozimbye nti, “Situka, ositule akatanda ko, weddireyo ewuwo.” Amangwago omusajja nʼasituka nʼasitula akatanda kwe yali agalamidde, nʼaddayo ewuwe ngʼagulumiza Katonda. Abantu bonna ne bajjula encukwe. Ne bagulumiza Katonda nga bajjudde entiisa nga boogera nti, “Tulabye ebyewuunyisa leero.”

Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ngʼayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu nʼomusajja eyalina omukono ogukaze. Abannyonnyozi bʼamateeka nʼAbafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko nʼekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango. Naye Yesu nʼategeera ebirowoozo byabwe. Nʼagamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Situka oyimirire wakati wano.” Nʼasituka nʼayimirira. Yesu nʼalyoka agamba Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka nti, “Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?” Nʼabeetoolooza amaaso kinnoomu, nʼalyoka agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Omusajja nʼagolola omukono gwe ne guwona.

Awo Yesu bwe yava ku lusozi awamu nabo, nʼayimirira wansi wʼolusozi mu lusenyi awatereevu, ekibiina kinene ekyʼabayigirizwa be, nʼekibiina kinene ekyʼabantu abaava mu Buyudaaya yonna ne Yerusaalemi nʼebitundu ebyʼoku lubalama lwʼennyanja olwa Ttuulo ne Sidoni, ne bajja okumuwuliriza nʼokuwonyezebwa endwadde zaabwe. Abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi ne bawonyezebwa; era abantu bonna ne bafuba okumukwatako, kubanga amaanyi agawonya gaamuvangamu nga gawonya buli muntu.

Mu kiseera ekyo, omukulu wʼekitongole kyʼabaserikale ekikumi, yalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali mulwadde nnyo ngʼali kumpi nʼokufa. Omukulu wʼekitongole oyo bwe yawulira ebifa ku Yesu, nʼatuma abamu ku bakulembeze bʼAbayudaaya eri Yesu bamusabe ajje awonye omuddu we. Bwe baatuuka eri Yesu ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti, “Omusajja ono asaanira okuyambibwa nga bwʼakusabye, kubanga ayagala nnyo eggwanga lyaffe, era ye yatuzimbira ne kkuŋŋaaniro lyaffe!” Bwʼatyo Yesu nʼagenda nabo. Naye Yesu bwe yali akyali mu kkubo nga tannatuuka ku nnyumba, omukulu wʼekitongole nʼatuma mikwano gye eri Yesu ngʼagamba nti, “Mukama wange, teweeteganya bwʼotyo, kubanga nze sisaanira kukusembeza mu nju yange. Era kyenavudde nnema okujja gyʼoli nze nzennyini. Naye yogera bwogezi kigambo, omuweereza wange anaawona! Kubanga nange nnina abakulu abantwala, ate waliwo nʼabali wansi wange be nninako obuyinza. Bwe ŋŋamba ono nti, ‘Genda,’ agenda, nʼoli nti, ‘Jjangu,’ ajja; nʼomuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.” Yesu bwe yawulira ebigambo ebyo nʼamwewuunya nnyo, nʼakyukira ekibiina kyʼabantu abaali bamugoberera nʼagamba nti, “Mbagamba nti Sirabanga kukkiriza kunene nga kuno, wadde mu Isirayiri.” Awo omukulu wʼekitongole be yatuma eri Yesu bwe baddayo mu nnyumba ye, baasanga omuddu awonye.

Bwe yali asemberera omulyango gwʼekibuga, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga nga beettisse omulambo gwʼomuvubuka eyali mutabani wʼomukazi nnamwandu, ate nga ye mwana we yekka. Ekibiina kyʼabantu abaali bava mu kibuga baali bangi nnyo. Awo Mukama waffe bwe yalaba nnamwandu nʼamusaasira, nʼamugamba nti, “Tokaaba.” Nʼasemberera essanduuko, abaali bagisitudde ne bayimirira, Yesu nʼayogera nti, “Omuvubuka, nkulagira nti Ggolokoka!” Eyali afudde nʼatuula era nʼatandika okwogera. Yesu nʼamuddiza nnyina. Buli omu nʼajjula entiisa, ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Nnabbi owʼamaanyi atulabikidde, era Katonda akyalidde abantu be.” Ebigambo ebyo ne bibuna Buyudaaya yonna nʼokwetooloola emiriraano gyayo.

Mu kiseera ekyo Yesu nʼawonya endwadde nnyingi eza buli ngeri: nʼabalema, nʼabaaliko emyoyo emibi, nʼazibula nʼabazibe bʼamaaso. Abaatumibwa nʼabaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe bʼamaaso bazibulwa amaaso ne balaba, nʼabalema batambula, nʼabagenge balongoosebwa, nʼabaggavu bʼamatu gagguka ne bawulira, nʼabafu bazuukizibwa, era nʼabaavu babuulirwa Enjiri.

Waaliwo nʼabakazi Yesu be yali agobyeko emyoyo emibi ne be yali awonyezza endwadde. Mu bo mwe mwali ne Maliyamu eyayitibwanga Magudaleene gwe yagobako baddayimooni omusanvu,

Lwali lumu Yesu nʼalinnya mu lyato nʼabayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Tuwunguke tugende emitala wʼennyanja.” Ne basimbula okugenda. Bwe baali baseeyeeya Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogwʼamaanyi ne gukunta ku nnyanja, nʼeryato ne liyuuga nnyo, ne baba mu kabi kanene. Abayigirizwa ne bamuzuukusa, ne bagamba nti, “Mukama waffe, Mukama waffe, tusaanawo!” Nʼazuukuka nʼaboggolera omuyaga nʼamazzi agaali geefuukudde. Ne bikkakkana, ennyanja nʼetteeka! Nʼalyoka abagamba nti, “Okukkiriza kwammwe kuluwa?” Ne batya, ne beewuunya nnyo, ne bagambagana nti, “Omuntu ono ye ani? Alagira omuyaga nʼamazzi ne bimugondera!”

Awo Yesu bwe yava mu lyato omusajja eyaliko baddayimooni nʼajja okumusisinkana ngʼava mu kibuga. Omusajja oyo yali amaze ebbanga ddene nga tayambala ngoye, nga tasula na mu nju, wabula ngʼasula mu ntaana. Awo bwe yalaba Yesu nʼawowoggana nʼagwa wansi mu maaso ga Yesu, nʼaleekaana nti, “Onjagaza ki, Yesu, Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayiridde tombonyaabonya!” Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku musajja oyo. Emirundi mingi yalumbibwanga nʼamaanyi mangi, ne bwe baamusibanga nʼenjegere, nʼakuumibwa mu masamba, yabikutulanga, ddayimooni nʼamulaza mu ddungu. Awo Yesu nʼabuuza omusajja nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” Omusajja nʼaddamu nti, “Nze Ligyoni,” kubanga omusajja yaliko baddayimooni bangi. Baddayimooni ne beegayirira Yesu aleme okubagobera mu bunnya obutakoma. Waaliwo eggana lyʼembizzi, awo ku lusozi, nga lirya, baddayimooni ne beegayirira Yesu abasindike mu mbizzi ezo. Yesu nʼabakkiriza. Baddayimooni ne bava ku musajja ne bayingira mu mbizzi, amangwago eggana lyonna ne lifubutuka nga liserengeta olusozi, ne lyewanula ku bbangabanga, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo. Abalunzi bʼembizzi ezo bwe baakiraba, ne badduka embiro ne bagenda, ne bategeeza abʼomu malundiro ne mu kibuga, ebintu byonna ebibaddewo. Ekibiina kyʼabantu ne bagenda okulaba ebibaddewo ne bajja eri Yesu, ne balaba omusajja eyagobwako baddayimooni ngʼatudde awo awali ebigere bya Yesu ngʼayambadde engoye era nga mulamu ddala! Ne batya nnyo. Abo abaaliwo okusookera ddala ne bategeeza abalala ngʼomusajja eyaliko ddayimooni bwe yawonyezebwa. Awo abantu bonna abʼensi eyo eyʼAbagerasene ne basaba Yesu abaviire, kubanga baali batidde nnyo. Nʼasaabala mu lyato nʼavaayo.

Mu kibiina kyʼabantu ekyo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi nʼebiri ngʼalwadde ekikulukuto kyʼomusaayi. Yali atambudde nnyo mu basawo era nga bamumazeeko ebintu bye byonna ngʼabasasula, naye ne watabaawo asobola kumuwonya. Omukazi ono nʼasemberera Yesu ngʼamuvaako emabega, nʼakoma ku lukugiro lwʼekyambalo kya Yesu, ekikulukuto kyʼomusaayi ne kiwona mu kaseera ako kennyini! Yesu nʼabuuza nti, “Ani ankutteko?” Bonna ne beegaana, naye Peetero nʼagamba nti, “Mukama waffe, ekibiina kyʼabantu kinene abakwetoolodde era abantu bangi bakunyigiriza.” Naye Yesu nʼaddamu nti, “Waliwo ankutteko kubanga mpulidde ngʼamaanyi ganvaamu.” Awo omukazi bwe yategeera ngʼavumbuddwa, nʼajja ngʼakankana nʼafukamira mu maaso ga Yesu, nʼannyonnyola mu maaso gʼabantu bonna ensonga kyeyavudde amukwatako, era nti nʼobulwadde bwe bwawoneddewo! Yesu nʼagamba omukazi nti, “Mwana wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe.”

Awo Yesu bwe yali ngʼakyayogera omuntu nʼatuuka ngʼava mu maka gʼomukulu wʼekkuŋŋaaniro, nʼagamba Yayiro nti, “Muwala wo afudde! Omuyigiriza toyongera kumuteganya.” Naye Yesu bwe yakiwulira nʼamugamba nti, “Totya! Kkiriza bukkiriza, ajja kuba mulamu.” Awo Yesu bwe yatuuka ku nnyumba ya Yayiro, nʼatakkiriza bantu balala kuyingira naye mu nju wabula Peetero, ne Yokaana, ne Yakobo, ne kitaawe wʼomwana, ne nnyina. Mu kiseera ekyo abantu bonna baali bakaaba nga bakungubagira omwana oyo. Yesu nʼabagamba nti, “Mulekeraawo okukaaba! Omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi!” Ne bamusekerera nnyo, kubanga bonna baali bamanyi ngʼomuwala afudde. Naye Yesu nʼakwata omuwala eyali afudde ku mukono, nʼakoowoola ngʼagamba nti, “Omuwala, golokoka!” Amangwago nʼaba mulamu, nʼasituka nʼayimirira. Yesu nʼabalagira bamuwe ekyokulya. Bazadde bʼomuwala ne beewuunya, naye Yesu nʼabakuutira obutabuulirako muntu yenna ebibaddewo.

Awo olunaku lwali lumu Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri bonna awamu, nʼabawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu nʼokuwonya endwadde. Nʼabatuma bagende bategeeze abantu ebigambo byʼobwakabaka bwa Katonda era bawonye nʼabalwadde.

Ne bagenda nga bava mu kibuga ekimu nga badda mu kirala, nga babuulira Enjiri buli wamu era nga bawonya.

Naye ebibiina bwe baakitegeera ne kimugoberera. Yesu nʼabaaniriza, nʼabayigiriza ebigambo ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda, nʼabaali abalwadde nʼabawonya.

Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ekkumi nʼababiri ne bajja gyʼali ne bamugamba nti, “Abantu bagambe bagende mu bibuga ebyetoolodde wano ne mu byalo beefunire we banaafuna ku mmere nʼokusula, kubanga wano tuli mu ttale jjereere.” Yesu nʼabaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya!” Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Wano tulinawo emigaati etaano gyokka nʼebyennyanja bibiri, mpozi nga tugenda tugulire abantu bano bonna emmere.” Waaliwo abasajja ngʼenkumi ttaano. Naye Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Mutuuze abantu mu bibiina byʼabantu ngʼamakumi ataano buli kimu.” Abayigirizwa ne bakola bwe batyo, bonna ne batuula. Awo Yesu nʼaddira emigaati etaano nʼebyennyanja ebibiri nʼatunula eri eggulu, ne yeebaza, nʼamenyaamenya emigaati nʼebyennyanja, nʼawa abayigirizwa be bagabule abantu. Bonna ne balya ne bakkuta, era obutundutundu obwalema bwe bwakuŋŋaanyizibwa ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri.

Bwe yali ngʼasaba endabika yʼamaaso ge nʼekyusibwa, ebyambalo bye ne byeruka ne bitukula nnyo era ne byakaayakana.

Omusajja eyali mu kibiina nʼayogerera waggulu ngʼagamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina. Kubanga dayimooni buli bbanga amukwata nʼamuwowogganya, era nʼamukankanya nʼabimba ejjovu nʼamusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi. Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.” Awo Yesu nʼaddamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.” Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni nʼamusuula wansi nʼamukankanya nnyo. Yesu nʼaboggolera omwoyo omubi nʼawonya omwana, nʼamuddiza kitaawe. Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya ebyʼekitalo ebyo Yesu bye yali akola, nʼagamba abayigirizwa be nti,

Buli kibuga kye mutuukangamu ne babaaniriza, mulyenga ebyo bye babawadde okulya. Muwonyenga abalwadde abalimu, era mugambenga abantu abo nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’

Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ezʼobusagwa nʼokuwangula amaanyi gonna agʼomulabe. Era tewali kigenda kubakola kabi. Naye temusanyuka nnyo kubanga baddayimooni babagondera, wabula mujaguze nti Amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”

Lwali lumu Yesu nʼagoba dayimooni ku musajja eyali tayogera. Dayimooni bwe yamuvaako, omusajja oyo nʼayogera, ekibiina ne kyewuunya.

Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ngʼayigiriza mu kkuŋŋaaniro, ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola. Yesu nʼamulaba, nʼamuyita nʼamugamba nti, “Mukazi wattu, owonyezeddwa obulwadde bwo.” Nʼamukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola nʼayimirira bulungi, nʼatendereza Katonda! Naye omukulembeze wʼekkuŋŋaaniro eryo nʼanyiiga nnyo, kubanga Yesu yawonya ku lunaku lwa Ssabbiiti. Nʼagamba ekibiina nti, “Mu wiiki mulimu ennaku mukaaga, muyinza okujjanga mu nnaku ezo ne muwonyezebwa, naye so si ku Ssabbiiti!” Mukama waffe nʼamuddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Buli omu ku mmwe tasumulula nte ye oba ndogoyi ye ku Ssabbiiti nʼagitwala okunywa amazzi? Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bwʼamazeemu emyaka ekkumi nʼomunaana?” Bwe yayogera bwʼatyo abaali bamuwakanya bonna ne baswala, naye ekibiina kyʼabantu bonna ne bajjula essanyu olwʼebintu ebyʼekitalo bye yakola.

Yesu nʼabaddamu nti, “Mugende mugambe ekibe ekyo nti laba ngoba baddayimooni, nʼokuwonya abalwadde, leero, nʼenkya, era ku lunaku olwokusatu ndimaliriza.

Waaliwo omusajja omulwadde wʼentumbi ngʼatudde okwolekera Yesu we yali. Awo Yesu nʼabuuza Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka nti, “Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?” Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, nʼamuwonya, nʼamugamba yeetambulire.

Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.” Mukama waffe nʼabagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ngʼakaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.

Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako ne bakoowoola mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!” Yesu bwe yabalaba nʼabagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu. Omu ku bo bwe yalaba ngʼawonye nʼakomawo eri Yesu nga bwʼaleekaanira waggulu ngʼatendereza Katonda. Nʼagwa wansi ku bigere bya Yesu ngʼamwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya. Yesu nʼagamba nti, “Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa? Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka yʼakomyewo?” Awo Yesu nʼamugamba nti, “Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.”

Yesu nʼaddamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”

Awo Yesu bwe yali ngʼasemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe wʼamaaso eyali atudde ku kkubo ngʼasabiriza. Awo omusajja oyo bwe yawulira ngʼekibiina kyʼabantu bayitawo, nʼabuuza nti, “Kiki ekyo?” Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo.” Omuzibe wʼamaaso nʼakoowoola nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!” Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Omwana wa Dawudi, onsaasire!” Awo Yesu nʼayimirira, nʼalagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu nʼamubuuza nti, “Kiki kyʼoyagala nkukolere?” Omusajja nʼaddamu nti, “Mukama wange, njagala nziremu okulaba!” Yesu nʼamugamba nti, “Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza.” Amangwago nʼaddamu okulaba, nʼagoberera Yesu ngʼatendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.

Era omu ku bo nʼatemako nʼekitala okutu kwʼomuweereza wa Kabona Asinga Obukulu. Naye Yesu nʼabagamba nti, “Temwongera kubalwanyisa.” Nʼakwata ku kutu kwʼomusajja, nʼamuwonya!

Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti,

Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu nʼajja gyʼali nʼamugamba nti, “Tebakyalina wayini.” Yesu nʼamuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.” Nnyina Yesu nʼagamba abaweereza nti, “Kyonna kyʼabagamba kye muba mukola.” Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olwʼomukolo gwʼAbayudaaya ogwʼokwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano. Yesu nʼagamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo. Awo nʼabagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu wʼabagabuzi.” Ne basena ne bamutwalira. Omukulu wʼabagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gyʼavudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, nʼayita omugole omusajja nʼamugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, nʼoluvannyuma ngʼabagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo nʼalyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gwʼosembezzaayo!” Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana ekyʼe Ggaliraaya, ngʼalaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza.

Awo Yesu bwe yali mu Yerusaalemi mu kiseera ekyʼEmbaga eyʼOkuyitako, bangi baalaba obubonero bwe yali akola ne bakkiriza erinnya lye.

nʼajja eri Yesu ekiro okwogera naye. Nʼamugamba nti, “Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda kubanga ebyʼamagero byʼokola tewali ayinza kubikola okuggyako nga Katonda ali wamu naye.”

Yesu nʼakomawo mu Kaana ekyʼe Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti owʼe Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde. Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, nʼagenda gyʼali nʼamusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi nʼokufa. Yesu nʼamugamba nti, “Temusobola kunzikiriza nga temulabye ku bubonero na byamagero?” Omukungu nʼamugamba nti, “Mukama wange, nkusaba oserengete ojje ngʼomwana wange tannafa!” Awo Yesu nʼamugamba nti, “Ggenda mutabani wo awonye!” Omusajja nʼakkiriza Yesu kyʼamugambye nʼagenda. Naye bwe yali ngʼakyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti Mutabani we awonye. Nʼababuuza ekiseera omulenzi we yassuukidde. Ne bamuddamu nti, “Jjo olwʼeggulo essaawa nga musanvu omusujja ne gumuwonako!” Awo Kitaawe wʼomulenzi nʼajjukira nga kyʼekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo nʼabʼenju ye bonna ne bakkiriza.

Munda mu Yerusaalemi, okumpi nʼOmulyango gwʼEndiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola. Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe bʼamaaso, nʼabakoozimbye. Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama nʼajja nʼatabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ngʼamazzi gaakatabulwa, ngʼawonyezebwa. Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana. Yesu bwe yamulaba nʼamanya nga bwʼamaze ebbanga eddene nga mulwadde, nʼamubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?” Omusajja omulwadde nʼamuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ngʼamazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ngʼomulala yansoose dda.” Yesu nʼamugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.” Amangwago omusajja nʼawonyezebwa. Nʼazingako omukeeka gwe ne yeetambulira. Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti.

Ekibiina kyʼabantu kinene ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyamagero bye yakola ngʼawonya abalwadde.

Yesu bwe yayimusa amaaso nʼalaba ekibiina kyʼabantu ekinene, nga bajja gyʼali, nʼagamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?” Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi kyʼagenda okukola. Firipo nʼamuddamu nti, “Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono.” Awo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, nʼamugamba nti, “Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, nʼebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?” Yesu nʼabagamba nti, “Mutuuze abantu.” Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ngʼenkumi ttaano. Awo Yesu nʼatoola emigaati ne yeebaza Katonda, nʼagabula abantu abatudde. Nʼebyennyanja nʼakola bwʼatyo. Bonna ne balya ne bakkuta. Oluvannyuma Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa.” Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri ebyʼobutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya. Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, “Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!”

Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ngʼatambulira ku mazzi, ngʼasemberera eryato, ne batya. Yesu nʼabagamba nti, “Ye Nze, temutya!” Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.

Awo ne bakwata amayinja okumukuba, kyokka Yesu ne yeekweka nʼafuluma mu Yeekaalu.

Awo Yesu bwe yali ngʼatambula, nʼalaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe wʼamaaso. Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe wʼamaaso?” Yesu nʼaddamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye. Kale kitugwanidde okukola emirimu gyʼoyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mwʼatasobolera kukola. Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.” Yesu bwe yamala okwogera bwʼatyo, nʼawanda amalusu ku ttaka nʼatabula, nʼalisiiga ku maaso gʼomusajja oyo. Nʼamugamba nti, “Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu,” amakulu nti, “Eyatumibwa”. Awo omusajja nʼagenda, nʼanaaba, nʼadda ngʼalaba. Baliraanwa bʼoyo eyawonyezebwa era nʼabalala abaali bamumanyi nga muzibe wʼamaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, “Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ngʼasabiriza?”

Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. Kale omuntu ono eyanzibula amaaso singa teyava wa Katonda ekyo teyandikisobodde.”

Yesu nʼagamba nti, “Muggyeewo ejjinja.” Naye Maliza, mwannyina wʼomufu, nʼamugamba nti, “Kaakano awunya nnyo, kubanga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.” Yesu nʼamuddamu nti, “Saakugambye nti Bwʼonokkiriza onoolaba ekitiibwa kya Katonda?” Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu nʼatunula waggulu nʼagamba nti, “Kitange nkwebaza olwʼokumpulira. Mmanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde olwʼabantu bano abayimiridde wano, balyoke bakkirize nti Ggwe wantuma.” Bwe yamala okwogera bwʼatyo, nʼakoowoola mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Laazaalo fuluma.” Awo Laazaalo nʼava mu ntaana, ngʼamagulu ge nʼemikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga nʼekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu nʼabagamba nti, “Mumusumulule atambule.”

Awo bakabona abakulu nʼAbafalisaayo ne batuuza olukiiko ne bagamba nti, “Tukole ki? Kubanga omuntu ono akola ebyamagero bingi.

Kyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza.

Kale munzikirize nti Ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olwʼemirimu gyokka. “Ddala ddala mbagamba nti Buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange.

Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”

Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.

Akawungeezi ako abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ngʼenzigi nsibe olwʼokutya Abayudaaya, Yesu nʼajja nʼayimirira wakati mu bo. Nʼabagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.” Bwe yamala okwogera ebyo nʼabalaga ebibatu bye nʼembiriizi ze. Abayigirizwa bwe baalaba Mukama ne basanyuka nnyo.

Bayigirizwa banne ne bamugamba nti, “Tulabye Mukama waffe.” Ye nʼabagamba nti, “Okuggyako nga ndabye enkovu ezʼemisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.” Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu, era bali mu nnyumba, Tomasi yali nabo. Yesu nʼajja, enzigi nga nsibe, nʼayimirira wakati mu bo nʼabagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe,” Awo nʼagamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.” Tomasi nʼamuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”

Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ngʼabayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino.

Simooni Peetero nʼabagamba nti, “ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Ka tugende ffenna.” Ne bagenda ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasaayo kintu. Bwe bwali bukya, Yesu nʼayimirira ku lubalama, naye abayigirizwa ne batamutegeera. Yesu nʼababuuza nti, “Abaana, mukwasizzaayo?” Ne baddamu nti, “Nedda,” Yesu nʼabagamba nti, “Kale musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olwʼeryato, mujja ku kukwasa.” Awo ne basuula, naye ne batasobola kukannyulula olwʼebyennyanja ebingi bye baakwasa! Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo nʼagamba Peetero nti, “Oyo Mukama waffe!” Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi. Abayigirizwa abalala bo ne bajjira mu lyato nga basika akatimba akaalimu ebyennyanja. Tebaali wala nʼolukalu, baali nga mita kyenda. Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogwʼamanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja nʼomugaati. Yesu nʼabagamba nti, “Muleete ku byennyanja bye muva okukwasa kaakano.” Awo Simooni Peetero nʼagenda nʼawalula akatimba nʼakatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo naye akatimba tekaakutuka.

Peetero bwe yakyuka, nʼalaba omuyigirizwa oli Yesu gwe yayagalanga ennyo nga naye agoberera. Oyo ye muyigiriza eyagalamira okumpi nʼekifuba kya Yesu nga balya ekyekiro ekyʼenkomerero, amale abuuze Yesu nti, “Mukama waffe ani agenda okukulyamu olukwe?” Peetero bwe yamulaba kwe kubuuza Yesu nti, “Mukama wange, ate ono aliba atya?” Yesu nʼamugamba nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki? Ggwe goberera Nze.” Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu booluganda nti Omuyigirizwa oyo talifa. Naye Yesu teyagamba nti Omuyigirizwa oyo talifa, wabula yagamba bugambi nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki?”

Waliwo nʼebintu ebirala bingi Yesu bye yakola ebitaawandiikibwa. Era singa nabyo byawandiikibwa kinnakimu, ndowooza nga nʼensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.

Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era nʼabakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ngʼayogera nabo ku bigambo byʼobwakabaka bwa Katonda.

Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bwʼalimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero zʼensi.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.

Amangwago okuwuuma, nga kuli ngʼempewo eyʼamaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde. Ku buli omu ne kutuulako ennimi ngʼezʼomuliro. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ezʼenjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa. Waaliwo Abayudaaya bangi abatya Katonda abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu buli ggwanga wansi wʼeggulu. Bwe baawulira okuwuuma okwo, ekibiina kinene ne kikuŋŋaana, ne beewuunya okuwulira nga buli muntu awulira olulimi lwʼewaabwe.

‘Olulituuka mu nnaku ezʼoluvannyuma, bwʼayogera Katonda, ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi; nʼabavubuka bammwe balyolesebwa, nʼabakadde baliroota ebirooto. Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange, ku baweereza bange abasajja nʼabakazi; baliwa obunnabbi. Era ndikola ebyamagero mu ggulu waggulu, nʼobubonero ku nsi wansi, omusaayi nʼomuliro nʼekikoomi ekyʼomukka. Enjuba erifuuka ekizikiza, nʼomwezi gulimyuka ngʼomusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olwʼekitiibwa nga terunnatuuka.

“Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli nʼebyamagero ebyʼekitalo, Katonda bye yamukozesanga ngʼali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi.

Buli muntu nʼajjula okutya era ebyamagero bingi nʼobubonero bungi ne bikolebwanga abatume.

ne wabaawo omusajja eyazaalibwa nga mulema gwe baasitulanga ne bateekanga bulijjo ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi, okusabiriza. Awo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu nʼabasaba ensimbi. Ne bamwekaliriza amaaso, Peetero nʼalyoka amugamba nti, “Tutunuulire!” Nʼabatunuulira ngʼasuubira okuweebwayo akantu. Naye Peetero nʼagamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!” Awo Peetero nʼakwata omulema ku mukono ogwa ddyo nʼamuyimusa, amangwago ebigere byʼomusajja nʼobukongovvule ne bifuna amaanyi, nʼabuuka nʼayimirira nʼatandika okutambula! Nʼayingira nabo mu Yeekaalu ngʼatambula era nga bwʼabuuka ngʼatendereza Katonda. Abantu bonna ne baamulaba ngʼatambula, era ngʼatendereza Katonda, ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi ngʼasabiriza, ne bawuniikirira era ne beewuunya nnyo olwʼekyo ekimutuuseeko. Awo omusajja eyali omulema bwe yali ngʼakyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde.

Awo Peetero bwe yabalaba nʼagamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ngʼabagamba nti Obulungi bwaffe nʼobuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono?

Olwʼokukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.”

Awo abʼOlukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate nʼokutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ngʼabasajja abo baabeeranga ne Yesu. Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ngʼayimiridde nabo, nʼekyʼokubaddamu ne kibabula. Ne babalagira okugira nga babeera wabweru Olukiiko lubakubaganyeko ebirowoozo. Abʼolukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero ekyʼamaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde.

Ne kaakano, Ayi Mukama, wulira okutiisatiisa kwabwe; owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo, golola omukono gwo owonye, nʼobubonero nʼebyamagero bikolebwenga mu linnya lyʼOmuweereza wo Omutukuvu Yesu.” Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda nʼobuvumu.

Waaliwo omusajja erinnya lye Ananiya ne mukyala we Safira, nʼatunda ebibye ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ngʼamanyi, nʼaleetako kitundu butundu nʼakiteeka ku bigere byʼabatume. Naye Peetero nʼagamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, nʼokulimba nʼolimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gwʼennimiro? Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.” Ananiya olwawulira ebigambo ebyo nʼagwa eri nʼafiirawo! Bonna abaawulira ebyo ne bakwatibwa entiisa ya maanyi. Abavubuka ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika. Bwe waali wayiseewo essaawa nga ssatu, mukyala we naye nʼayingira, kyokka nga tategedde bibaddewo. Peetero nʼamubuuza nti, “Mbuulira, omuwendo guno gwe gwo gwe mwaggya mu nnimiro gye mwatunda?” Omukyala nʼaddamu nti, “Yee, gwe guugwo.” Awo Peetero nʼamugamba nti, “Lwaki mwateesezza okukema Omwoyo wa Mukama? Laba, ebigere byʼabo abaziise balo biri ku mulyango naawe bagenda kukutwala.” Amangwago nʼagwa wansi ku bigere bya Peetero nʼafiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ngʼafudde ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba. Entiisa eyʼamaanyi nʼebuna Ekkanisa yonna na buli muntu eyawulira ebigambo ebyo.

Abatume ne baba nʼomwoyo gumu ne bakuŋŋaananga mu kisasi kya Sulemaani, ne bakola ebyamagero bingi mu bantu. So ne wataba nʼomu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, newaakubadde ngʼabantu bonna baabasiima nnyo. Abakkiriza bangi abasajja nʼabakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe. Abantu ne baleeta abalwadde baabwe ku nguudo zʼomu kibuga, ne babagalamizanga ku butanda ne ku bikeeka, ekisiikirize kya Peetero kibatuukeko ngʼazze. Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde nʼabaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.

Naye mu kiro, malayika wa Mukama nʼajja nʼaggulawo enzigi zʼekkomera nʼabafulumya, nʼabagamba nti, “Mugende muyimirire mu Yeekaalu mutegeeze abantu bonna ebigambo ebyʼobulamu buno.” Bwe baawulira ebyo ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Kabona Asinga Obukulu ne be yali nabo ne bajja ne batuuza Olukiiko Olukulu olwʼabakulu bʼabaana ba Isirayiri, ne balyoka batuma mu kkomera okuleeta abasibe babawozese. Naye abaweereza bwe baatuuka mu kkomera tebaabasangamu. Ne bakomawo ne bategeeza Olukiiko Olukulu nga bagamba nti, “Tusanze enzigi zʼekkomera nga nsibe nʼabakuumi bonna nʼabaserikale nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tuziggudde, tetusanzeemu muntu nʼomu.” Awo omukulu wʼabaserikale ba Yeekaalu awamu ne bakabona abakulu bwe baawulira ebyo ne basamaalirira nga beewuunya ebintu ebyo gye binaakoma. Omuntu omu nʼajja nʼabategeeza nti, “Abasajja be mwasibye mu kkomera bali eri mu Yeekaalu bayigiriza bantu.”

Suteefano, ngʼajjudde ekisa kya Katonda nʼamaanyi, nʼakolanga ebyamagero bingi nʼobubonero mu bantu.

AbʼOlukiiko bwe baamwekaliriza amaaso, ne balaba amaaso ge ngʼamasamasa ngʼaga malayika!

“Awo nga wayiseewo emyaka amakumi ana, Musa bwe yali ngʼali mu ddungu lyʼolusozi Sinaayi, malayika nʼamulabikira mu muliro ogwaka, wakati mu kisaka.

Oyo nʼabaggyayo ngʼamaze okukola ebyamagero nʼebyewuunyisa, mu nsi yʼe Misiri, nʼabayisa mu Nnyanja Emyufu, nʼabatambuza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana.

Ebibiina ne bimuwuliriza nnyo kubanga abantu bonna baalaba ebyamagero bye yakola. Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye nʼabalema bonna ne bawonyezebwa; ekibuga ne kijjula essanyu.

Awo ne Simooni yennyini nʼakkiriza era nʼabatizibwa, nʼagobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni nʼabyewuunya nnyo.

Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama nʼatwala Firipo, Omulaawe nʼataddayo kumulaba nate, naye nʼatambula olugendo lwe ngʼajjudde essanyu. Naye Firipo nʼalabikira mu Azoto, nʼagenda ngʼabuulira Enjiri mu bibuga byonna ebyʼomu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.

Awo Sawulo bwe yali atambula ngʼanaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala ekyʼamaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola. Nʼagwa wansi, nʼawulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?” Sawulo nʼabuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?” Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gwʼoyigganya! Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa kyʼosaanidde okukola.” Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa nʼekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ngʼeryʼomuntu naye nga tebalaba ayogera. Sawulo bwe yayimuka wansi nʼagezaako okutunula naye ngʼamaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko. Nʼamalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.

Bwʼatyo Ananiya nʼagenda nʼayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali nʼamussaako emikono nʼamugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ngʼojja antumye gyʼoli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” Amangwago ebintu ebyali ngʼamagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo nʼasobola okulaba, nʼayimirira nʼabatizibwa.

Eyo yasangayo omuntu erinnya lye Ayineya eyali akoozimbye ngʼamaze ku kitanda emyaka munaana nga mulwadde. Peetero nʼamugamba nti “Ayineya! Yesu Kristo akuwonya. Golokoka weeyalire!” Amangwago nʼawonyezebwa. Awo abantu bonna abaabeeranga mu Luda ne mu Saloni ne bakyukira Mukama, bwe baalaba nga Ayineya atambula.

Mu kiseera ekyo nʼalwala nnyo era nʼafa. Ne bateekateeka omulambo gwe ne bagugalamiza mu kisenge ekya waggulu. Naye bwe baawulira nga Peetero ali kumpi awo mu kibuga Luda ne bamutumira abasajja babiri ne bamwegayirira ajje e Yopa. Nʼakkiriza. Amangu ddala nga yaakatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu omulambo gwa Doluka gye gwali gugalamizibbwa. Ekisenge kyali kijjudde bannamwandu abaali bakaaba nga bwe balagaŋŋana ebyambalo Doluka bye yali abakoledde. Peetero nʼabasaba bonna bafulume, nʼafukamira nʼasaba. Nʼakyukira omulambo nʼayogera nti, “Tabbiisa golokoka.” Tabbiisa nʼazibula amaaso, era bwe yalaba Peetero nʼatuula. Peetero nʼamukwata ku mukono amuyambe okuyimuka, nʼalyoka ayita abakkiriza ne bannamwandu, nʼabamukwasa nga mulamu. Amawulire ago ne gayitiŋŋana mu kibuga Yopa kyonna era bangi ne bakkiriza Mukama.

Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu nʼamaanyi, eyatambula ngʼagenda akola ebirungi, ngʼawonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.”

nʼamusiba mu kkomera, ngʼamutaddeko abaserikale abamukuuma kkumi na mukaaga mu bibinja bina ebyʼabaserikale banabana. Kerode yali ategese amuleete mu bantu, ngʼEmbaga yʼOkuyitako ewedde. Peetero nʼakuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa nʼenyiikira nnyo okumusabira eri Katonda. Ekiro ekyo, ngʼenkeera Kerode ategese okuwaayo Peetero, Peetero yali yeebase wakati wʼabaserikale babiri, ngʼasibiddwa nʼenjegere bbiri, nga ne ku mulyango gwʼekkomera kuliko abakuumi. Laba malayika wa Mukama nʼayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika nʼakuba ku Peetero mu mbiriizi nʼamuzuukusa ngʼamugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi. Malayika nʼamugamba nti, “Weesibe olukoba lwo, oyambale nʼengatto zo.” Peetero nʼakola nga bwʼagambiddwa. Malayika nʼamugamba nti, “Kale, yambala omunagiro gwo ongoberere.” Awo Peetero nʼagoberera malayika. Naye ekiseera kino kyonna ngʼalowooza nti alabye kwolesebwa, nga tayinza kukitegeera nti byonna ebyali bimutuukako mu kaseera ako byaliwo ddala. Ne bayita ku bakuumi abasooka nʼabookubiri ne batuuka ku luggi olunene olwʼekyuma olufuluma mu kkomera nga luggukira mu kibuga. Luno ne lweggulawo lwokka, ne bayitamu. Bwe baatambulako akabanga mu luguudo mu kibuga, amangwago malayika nʼamuleka. Awo Peetero bwe yeddamu nʼalyoka ategeera bwe bibadde, nʼagamba nti, “Ntegeeredde ddala nga Mukama yatumye malayika we nʼanziggya mu mukono gwa Kerode, era nʼamponya nʼebyʼakabi byonna Abayudaaya bye babadde bantegekedde.”

Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu gʼerinnya lye mu Luyonaani), nʼabeekiikamu, nʼagezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo ebyʼokukkiriza. Naye Sawulo, era ngʼayitibwa Pawulo, nʼajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, nʼatunuulira Eruma enkaliriza, nʼamugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna nʼobukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe wʼobutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu? Kaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.” Amangwago olufu nʼekizikiza ne bimusaanikira, nʼatandika okuwammanta ngʼanoonya anaamukwata ku mukono. Awo gavana bwe yalaba ebibaddewo, nʼakkiriza, era nʼawuniikirira nnyo olwʼokuyigiriza kwʼekigambo kya Mukama.

Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira nʼobuvumu, era Mukama nʼakakasanga ekigambo kyʼekisa kye ngʼabawa okukola obubonero nʼebyamagero.

Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ngʼebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako. Nʼatuula awo ngʼawuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo nʼamwekaliriza amaaso nʼalaba ngʼalina okukkiriza okuwonyezebwa. Pawulo nʼamugamba mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja nʼayimirira, nʼatandika okutambula!

Ekibiina kyonna ne kisiriikirira ne bawuliriza Balunabba ne Pawulo nga babategeeza ebyʼamagero nʼobubonero Katonda bye yabakozesa nga bali ku mulimu gwe mu baamawanga.

Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba nʼennyimba ezʼokutendereza Katonda, nga nʼabasibe abalala bawuliriza, amangwago ne wabaawo musisi owʼamaanyi ennyo. Emisingi gyʼekkomera ne ginyeenyezebwa, nʼenzigi zʼekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era nʼenjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri! Omukuumi wʼekkomera nʼazuukuka, nʼalaba ngʼenzigi zonna nzigule, nʼalowooza nti Abasibe bonna badduse, nʼasowolayo ekitala kye yette!

Katonda nʼakozesanga Pawulo ebyʼamagero ebyʼekitalo. Obutambaala bwe nʼebiwero ebyʼengoye ze bwe byabikkibwanga ku balwadde nga bawona, era abaabangako baddayimooni nga babavaako.

Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko, eyali atudde mu ddirisa, otulo ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ngʼakyayogera, omuvubuka ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasimattuka mu ddirisa ku mwaliiro ogwokusatu nʼagwa ebweru nʼafiirawo. Pawulo nʼakka wansi nʼamusitula nʼamuwambaatira mu mikono gye. Nʼagamba nti, “Temweraliikirira, mulamu!” Awo bonna ne baddayo waggulu ne bamenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okwogera okutuusiza ddala obudde okukya, nʼalyoka asitula nʼagenda. Ne baddamu amaanyi, nʼomuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu.

Pawulo yali akuŋŋaanyizza akaganda kʼobuku, naye yali akassa ku muliro, omusota ogwʼobutwa ennyo ne guva mu buku obwo ne gweripa ku mukono gwe. Bwe baalaba ekintu ekireebeeta ku mukono gwa Pawulo ne bagambagana nti, “Ddala oyo mutemu. Newaakubadde ngʼennyanja yagiwonye, naye era omusango gukyamulondoola teguumuganye kulama!” Naye Pawulo omusota nʼagukunkumulira mu muliro nʼatabaako kabi konna. Abantu ne balindirira balabe bwʼatandika okuzimba oba okugwa eri afiirewo, naye bwe baalindiririra ebbanga eddene nga tebamulabako kamogo, ne baddamu okwerowooza, ne bagamba nti, “Oyo katonda!”

Waaliwo ennimiro okuliraana nʼolubalama lwʼennyanja we twali, nga ya Pabuliyo eyali omukulu wʼekizinga ekyo. Awo nʼatwaniriza mu maka ge nʼatusembeza nʼatulabirira okumala ennaku ssatu. Mu kiseera ekyo kitaawe yali mulwadde omusujja ngʼalimu ekiddukano kyʼomusaayi. Pawulo nʼagenda gyʼali nʼamusabira, nʼamussaako emikono nʼamuwonya! Ekyo bwe kyabaawo, nʼabalwadde abalala bonna ku kizinga abaalina endwadde ne bajja gyʼali ne bawonyezebwa.

Noolwekyo okukkiriza kujja olwʼokuwulira ekigambo kya Kristo.

ne mu maanyi agʼobubonero nʼebyʼamagero, ne mu maanyi agʼOmwoyo wa Katonda. Bwe ntyo okuva e Yerusaalemi nʼokwetooloola okutuuka mu Iruliko, mbulidde Enjiri ya Kristo mu bujjuvu.

Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi, naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, naye eri abaayitibwa, Abayudaaya nʼAbamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda.

Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli. Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa. Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo. Era okubuulira kwange nʼokuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu, okukkiriza kwammwe kuleme kuba kwʼamagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.

Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olwʼokugasa bonna. Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo ekyʼamagezi, omulala Omwoyo oyo omu nʼamuwa okuyiga nʼategeera. Omulala Omwoyo yʼomu nʼamuwa okukkiriza, nʼomulala nʼamuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde. Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, nʼomulala nʼamuwa okwogera ebyʼobunnabbi, ate omulala nʼamuwa okwawulanga emyoyo emirungi nʼemibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, nʼomulala nʼamuwa okuzivvuunula. Naye Omwoyo akola ebyo byonna yʼomu, yʼagabira buli muntu ngʼOmwoyo oyo bwʼayagala.

Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, nʼabookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola ebyʼamagero, ne kuddako abalina ebirabo ebyʼokuwonya endwadde, nʼokuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era nʼaboogezi bʼennimi. Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? Bonna balina ekirabo kyʼokuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi? Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.

Singa njogera ennimi zʼabantu nʼeza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ngʼekidde, ekireekaana oba ngʼekitaasa ekisaala. Ne bwe mba nʼekirabo ekyʼokwogera ebyʼobunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba nʼokukkiriza okungi ne kunsobozesa nʼokusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu.

Mugobererenga okwagala era muluubirirenga ebirabo ebyʼOmwoyo, na ddala ekirabo ekyʼokwogera ebyʼobunnabbi. Kubanga ayogera mu nnimi tayogera nʼabantu, wabula ayogera na Katonda. Kubanga tewali nʼomu ategeera byʼagamba. Aba ayogera bya kyama mu Mwoyo. Naye oyo ategeeza abantu ebyʼobunnabbi ayogera ebibazimba, ebibagumya era nʼokubazzaamu amaanyi. Ayogera ennimi yeezimba yekka, naye oyo ayogera ebyʼobunnabbi azimba ekibiina kyonna ekyʼabakkiriza. Nandyagadde mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala nandyagadde mwenna mwogere ebyʼobunnabbi, kubanga ayogera ebyʼobunnabbi akira oyo ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, Ekkanisa eryoke egasibwe. Kale kaakano, abooluganda, bwe nzija gye muli ne njogera mu nnimi mbagasa ntya? Naye bwe mbategeeza ebyo Katonda byʼambikulidde oba bye njize mu kutegeera, oba ebyʼobunnabbi, oba bye njigiriza, olwo mmanyi nga mbagasa.

Noolwekyo ennimi kyeziva ziba akabonero, si eri abo abakkiriza naye eri abo abatali bakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kwʼabo abakkiriza so si abo abatali bakkiriza. Kale singa Ekkanisa ekuŋŋaana bonna ne boogera mu nnimi abatamanyi oba abatali bakkiriza ne bayingira, tebagamba nti Mulaluse? Naye singa bonna boogera ebyʼobunnabbi, atali mukkiriza oba atamanyi nʼayingira, ebyo ebyogerebwa byonna, bijja kumuleetera okulumirizibwa olwʼebibi bye, yeesalire omusango, ebyama byʼomu mutima gwe bibikkulwe, alyoke afukamire asinze Katonda, nga bwʼagamba nti, “Ddala Katonda ali mu mmwe.”

Kale baganda bange muyaayaanirenga okwogera ebyʼobunnabbi, kyokka okwogera mu nnimi temukuziyiza.

Ekyʼamazima obubonero obwʼomutume bwakolerwa mu mmwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero ne mu byewuunyo, ne mu bikolwa ebyʼamaanyi.

Kaakano nsaba nti Oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ngʼamaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe,

Katonda yakikakasiza mu bubonero ne mu byʼekitalo ne mu byamagero abitali bimu, era ne mu birabo ebya Mwoyo Mutukuvu bye yagaba nga bwe yayagala.

Okukkiriza kwe kukakasa ebyo bye tusuubira, bwe butabaamu kakunkuna newaakubadde nga tebirabika.

Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era nʼabo abamunoonya nʼobwesigwa abawa empeera.

Kyokka amusabenga mu kukkiriza, nga tabuusabuusa, kubanga oyo abuusabuusa ali ngʼejjengo eryʼoku nnyanja erisundibwa empewo.

Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze bʼEkkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo nʼokukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba nʼomutima omumalirivu ogwʼomuntu omutuukirivu, kubeera nʼobuyinza bungi, era nʼebivaamu biba bya ttendo.

Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo nʼasaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu nʼekitundu! Ate nʼasaba enkuba nʼetonnya, omuddo nʼebisimbe byonna ne biddamu okumera.

Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo byʼettaala ebya zaabu musanvu. Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu “eyali ngʼOmwana wʼOmuntu” eyali ayambadde ekyambalo ekiwanvu ekikoma ku bigere, nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu. Omutwe gwe nʼenviiri ze byali byeru ngʼebyoya byʼendiga ebyeru, era nga bifaanana ngʼomuzira, nʼamaaso ge nga gali ngʼennimi zʼomuliro. Ebigere bye byali ngʼekikomo ekizigule ekyakaayakana mu muliro nʼeddoboozi lye nga liyira ngʼamazzi amangi. Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ngʼalina ekitala ekyogi ekyʼobwogi obubiri mu kamwa ke; nʼekyenyi kye nga kiri ngʼenjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo.

Awo ne ndaba eggulu eriggya nʼensi empya. Eggulu eryasooka nʼensi eyasooka byali biweddewo nga nʼennyanja tekyaliwo. Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ngʼomugole bwʼabeera ku mbaga eyʼobugole bwe, ngʼayonjereddwa bbaawe.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net