01 – Baibuli Entukuvu

Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Baibuli Entukuvu.

Top 3 Ennyiriri za Baibuli Ezisinga Obukulu

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu,

Ddala ddala mbagamba nti Eggulu nʼensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira.

Kyokka buli agaana Nze era nʼagaana nʼebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olwʼenkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza.

Buli Lunyiriri Mu Nsengeka Ya Baibuli - 343 ebitundu

Katonda nʼalaba obutangaavu nga bulungi; nʼayawula obutangaavu nʼekizikiza.

Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ezʼomu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti ‘Temulyanga ku muti gwonna ogwʼomu nnimiro!’”

Katonda nʼalaba ngʼekibi kyʼomuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza yʼomutima gwʼomuntu mbi njereere ebbanga lyonna.

Mukama mulwanyi; MUKAMA, lyʼerinnya lye.

Musa nʼajja nʼategeeza abantu ebigambo byonna Mukama bye yamugamba awamu nʼamateeka ge gonna. Abantu bonna ne baddiramu wamu ne bagamba nti, “Ebigambo ebyo byonna Mukama byʼagambye tunaabikola.” Bwʼatyo Musa nʼawandiika ebigambo byonna Mukama bye yayogera. Awo Musa nʼakeera mu makya nʼazimba ekyoto awo wansi wʼolusozi; nʼasimbako nʼempagi kkumi na bbiri ngʼebika bya Isirayiri ekkumi nʼebibiri bwe byali.

Katonda si muntu, nti ayinza okulimba, oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye. Ayogera nʼatakola? Asuubiza nʼatatuukiriza?

Temwongerangako ku mateeka ge mbalagira, so temugatoolangako, naye mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbategeeza.

Kale, mulabe nno, mbayigirizza amateeka nʼebiragiro nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mulyoke mubigobererenga nga mutuuse mu nsi gye mugenda okuyingiramu, nʼokugyefunira ngʼobutaka bwammwe obwʼenkalakkalira. Mugagobererenga nʼobwegendereza, kubanga ekyo kiriraga ensi endala obugezi bwammwe nʼobutegeevu bwammwe. Ensi ezo bwe ziriwulira ku mateeka gano gonna zirigamba nti, “Ddala abantu bʼeggwanga lino ekkulu bategeevu era ba magezi.”

Kirungi mujjukire nga bwe mwayimirira awali Mukama Katonda wammwe, ku lusozi Kolebu, bwe yaŋŋamba nti, ‘Kuŋŋaanya abantu bonna obandeetere wano we ndi, bawulire ebigambo byange, balyoke bayige okumpulira nga bantya; banzisengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala ku nsi, era ebigambo ebyo babiyigirizenga abaana baabwe.

Kubanga Mukama Katonda wo muliro ogwokya ne gusaanyaawo, ye Katonda owʼobuggya.”

“Noolwekyo mwegenderezenga nnyo, mukolenga nga Mukama Katonda wammwe bwʼabalagidde; mulemenga okukyama okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono.

Oyagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼomwoyo gwo gwonna, nʼamaanyi go gonna. Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. Ogayigirizanga abaana bo nʼobwegendereza. Ogoogerengako bwʼonoobanga otudde mu maka go, ne bwʼonoobanga otambula mu kkubo, bwʼonoobanga ogalamiddeko, ne bwʼonoobanga ogolokose. Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obwʼokukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo. Onoogawandiikanga ku myango gyʼennyumba yo, era ne ku nzigi zo.

Era yakukkakkanya nʼakulumya enjala, nʼakuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda.

“Onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo ngʼotambuliranga mu makubo ge, era ngʼomutya, ngʼomussaamu ekitiibwa.

Era Mukama Katonda ne yeeyongera nʼaŋŋamba nti, “Neetegerezza abantu bano, ne ndaba nga bantu abalina ensingo enkakanyavu, nga ggwanga lya mputtu.

Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo kyʼakwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, nʼokumwagalanga, nʼokuweerezanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna nʼemmeeme yo yonna, nʼokugonderanga amateeka ga Mukama nʼebiragiro bye, nga bwe nkukuutira leero olwʼobulungi bwo?

Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga ebigambo bye byʼakukuutira, nʼebiragiro bye, nʼamateeka ge ennaku zonna.

Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ngʼakabonero akʼokubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe. Mubiyigirizenga abaana bammwe, ngʼobinyumyako bwʼonoobanga otudde mu nnyumba yo, ne bwʼonoobanga otambula mu nguudo; ne bwʼonoogalamirangako, era ne bwʼonoositukanga. Era onoobiwandiikanga ku myango ne ku nzigi,

Mulabe, ku lunaku lwa leero nteeka mu maaso gammwe omukisa nʼekikolimo. Omukisa, bwe munaagonderanga amateeka ga Mukama Katonda wammwe ge mbalagira leero; ekikolimo, bwe mutaagonderenga mateeka ga Mukama Katonda wammwe, ne mukyamanga okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne mugobereranga bakatonda abalala be mwali mutamanyi.

Kibagwanidde okunyiikiranga okukolanga buli kintu kye mbalagira, tokyongerangako wadde okukikendeezangako.

Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu nʼakutegeeza ebyʼomu maaso nga yeeyambisa ebirooto, nʼalangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo byʼanaabanga alangiridde ne bituukirira, nʼalyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe bʼotomanyangako), towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi wʼebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala nʼomutima gwammwe gwonna nʼemmeeme yammwe yonna. Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era nʼeddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga.

Ekitabo ekyo anaabeeranga nakyo bulijjo, era anaakisomanga ennaku zonna ezʼobulamu bwe, alyokenga ayige okutyanga Mukama Katonda we, ngʼagobereranga nʼobwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ne mu biragiro,

Mukama Katonda wo akulagira leero okugonderanga amateeka ago gonna nʼebiragiro ebyo; noolwekyo obigonderanga byonna nʼomutima gwo gwonna nʼemmeeme yo yonna.

“Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

Bwʼonoogonderanga Mukama Katonda wo nʼokwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza nʼakuteeka waggulu wʼamawanga gonna agʼoku nsi.

Awo olunaatuukanga bwʼotoogonderenga ddoboozi lya Mukama Katonda wo, nʼotokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye nkulagira leero, kale ebikolimo bino byonna binaakutuukangako ne bibeera naawe:

Ebintu ebyʼekyama bya Mukama Katonda waffe, naye ebyo ebyabikkulibwa bye byaffe nʼabaana baffe emirembe gyonna, tulyoke tugonderenga ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.

ngʼogondeddenga Mukama Katonda wo, nʼokwatanga amateeka ge nʼebiragiro bye ebiwandiikiddwa mu Kitabo ekyʼAmateeka kino, nʼodda eri Mukama Katonda wo nʼomukyukiranga nʼomutima gwo gwonna, nʼemmeeme yo yonna.

Ku lunaku lwa leero nkoowoola eggulu nʼensi nga be bajulirwa bange, ku mmwe, abategedde nga ntadde mu maaso gammwe, obulamu nʼokufa; nʼemikisa nʼebikolimo. Kale nno londawo obulamu, olyoke obeerenga mulamu, ggwe nʼezzadde lyo:

Okuŋŋaanyanga abantu: abasajja, nʼabakazi, nʼabaana, ne bannamawanga abanaaberanga mu bibuga byo, balyoke bawulirizenga era bayigenga okutya Mukama Katonda wammwe, era bagobererenga nʼobwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.

“Mutwale Ekitabo kyʼAmateeka kino mukiteeke awali Essanduuko eyʼEndagaano eya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga awo ngʼomujulirwa gyʼoli. Kubanga nkumanyi nga bwʼoli omujeemu era alina ensingo enkakanyavu. Obanga mubadde mujeemera Mukama Katonda nga nkyaliwo nammwe, kale nga mmaze okufa okujeema kwammwe tekuusingewo nnyo!

Ekitabo kino ekyʼamateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana nʼekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bwʼotyo bwʼoneefunira obuwanguzi nʼokukulaakulana.

Kyokka mutyenga Mukama era mumuweerezenga nʼobwesigwa nʼomutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu bye yabakolera.

Naye Samwiri nʼamugamba nti, “Mukama asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, okusinga okugondera eddoboozi lya Mukama? Okugonda kusinga ssaddaaka, era nʼokuwuliriza kusinga amasavu gʼendiga ennume. Kubanga obujeemu buli ngʼekibi ekyʼokusamira, era nʼobukakanyavu buli ngʼekibi ekyʼokusinza bakatonda abalala. Kubanga ojeemedde ekigambo kya Mukama, naye akugaanye okuba kabaka.” Awo Sawulo nʼagamba Samwiri nti, “Nyonoonye. Najeemedde ekiragiro kya Mukama era nʼebigambo byo, kubanga natidde abantu ne ŋŋendera ku bigambo byabwe.

Ntambulidde mu kkubo lya Mukama, era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu. Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange, era ssaava ku biragiro bye.

Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga Mukama Katonda waabwe.

“Mugende mumbulize ku Mukama, nze nʼabasigadde mu Isirayiri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo ebyʼomu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Mukama bungi nnyo nnyini era butubuubuukirako olwa bajjajjaffe abataagoberera kigambo kya Mukama okukikola nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino.”

Naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda, ne banyoomanga nʼebigambo bye, ne basekereranga bannabbi be, okutuusa obusungu bwa Katonda bwe bwabuubuukira ku bantu be awatali kubasaasira.

Ezera yali amaliridde mu mutima gwe okusoma nʼokukuuma Etteeka lya Mukama, era nʼokuyigirizanga amateeka nʼebiragiro byalyo mu Isirayiri.

Bonna abatya ebigambo bya Katonda wa Isirayiri ne bakuŋŋaanira we ndi, olwʼobutali bwesigwa obwʼabaawaŋŋangusibwa. Ne ntuula wansi nga nnakuwadde okutuusa ekiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi bwe kyatuuka.

Kyokka bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe gyaffe! Tetwegomba kumanya makubo go.

Saava ku biragiro byʼakamwa ke. Nayagala ebigambo byʼakamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo.

Mukama nʼaddamu Yobu ngʼayita mu muyaga, nʼayogera nti, “Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange, nʼebigambo ebitaliimu magezi? Yambala ebyambalo byo ngʼomusajja, mbeeko bye nkubuuza naawe onziremu.” “Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gyʼensi? Mbuulira bwʼoba otegeera.

Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama, era mu mateeka ago mwʼalowooleza emisana nʼekiro.

Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima. Bigeraageranyizibwa nʼeffeeza erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto ekyʼebbumba. Ayi Mukama, tukwesiga ngʼonootukuumanga, nʼotuwonya abantu abali ngʼabo emirembe gyonna.

Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama, ne sikola kibi eri Katonda wange.

Katonda byonna byʼakola bigolokofu; Mukama kyʼasuubiza akituukiriza; era bwe buddukiro bwʼabo bonna abamwekwekamu.

Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna, era kizzaamu amaanyi mu mwoyo. Etteeka lya Mukama lyesigika, ligeziwaza abatalina magezi. Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu, kusanyusa omutima gwʼoyo akugondera. Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso, bye galaba. Okutya Mukama kirungi, era kya mirembe gyonna. Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya, era bya butuukirivu ddala. Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu, okusingira ddala zaabu ennungi ennyo. Biwoomerera okusinga omubisi gwʼenjuki, okusukkirira omubisi gwʼenjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo. Ebyo bye birabula omuddu wo, era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.

Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera, era mu mazima go mwe ntambulira.

Eddoboozi lya Mukama lyʼamaanyi; eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.

Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo; ondokole, Ayi Mukama, Katonda owʼamazima.

Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mwʼonootambuliranga; nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira. Temubeeranga ngʼembalaasi oba ennyumbu ezitategeera, ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba, ziryoke zifugibwe zijje gyʼoli.

Ensi yonna esaana etyenga Mukama, nʼabantu abʼomu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;

Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna; nʼebigendererwa byʼomutima gwe bya lubeerera.

Mujje wano baana bange, mumpulirize; mbayigirize okutya Mukama.

Kyenava njogera nti, “Nzuuno, nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gwʼekitabo.” Nsanyukira okukola kyʼoyagala, Ayi Katonda wange, kubanga amateeka go gali mu mutima gwange. Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene. Sisirika busirisi, nga naawe bwʼomanyi, Ayi Mukama. Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange, naye ntegeeza ku bwesigwa bwo nʼobulokozi bwo. Abantu nga bakuŋŋaanye, sirema kubategeeza ku mazima go nʼokwagala kwo okungi.

Naye omubi Katonda amugamba nti, Lekeraawo okwatulanga amateeka gange, nʼendagaano yange togyogerangako. Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa, nʼebigambo byange tobissaako mwoyo.

Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda, era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.

Mukama yalangirira; ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:

tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda; ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.

Naye abantu bange tebampuliriza; Isirayiri teyaŋŋondera. Nange ne mbawaayo eri obujeemu bwʼomutima gwabwe, okugoberera ebyo bye baagala. Singa abantu bange bampuliriza; singa Isirayiri agondera ebiragiro byange, mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe, ne mbawangula. Abo abakyawa Mukama ne beegonza gyʼali; ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.

Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama, ntambulirenga mu mazima go; ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana, ntyenga erinnya lyo.

Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olwʼabatukuvu; era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.

Yaleeta ekizikiza ensi yonna nʼekwata, kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.

Kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda, ne banyoomoola amagezi gʼoyo Ali Waggulu Ennyo. Baakozesebwa emirimu egyʼamaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike; baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.

Yabatumira ekigambo kye, nʼawonya endwadde zaabwe; nʼabalokola mu kuzikirira.

Byʼakola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya; nʼamateeka ge gonna ga bwesigwa, Manywevu emirembe gyonna; era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.

Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu. Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.

Mutendereze Mukama! Alina omukisa omuntu atya Katonda, era asanyukira ennyo mu mateeka ge.

Kirungi okwesiga Mukama okusinga okwesiga omuntu. Kirungi okuddukira eri Mukama okusinga okwesiga abalangira.

Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu; abatambulira mu mateeka ga Mukama.

Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.

Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu? Anaalikuumanga ngʼagoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.

Nkunoonya nʼomutima gwange gwonna; tonzikiriza kuva ku mateeka go.

Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.

Njatula nʼakamwa kange amateeka go gonna ge walagira.

Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba ebyʼekitalo ebiri mu mateeka go.

Bulijjo emmeeme yange eyaayaanira amateeka go.

Onenya abʼamalala, abaakolimirwa, abaleka amateeka go.

Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu; olwʼekisa kyo njigiriza amateeka go.

Nonzeewo okubeera omwesigwa; ntambulire mu ebyo bye walagira.

Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go era ngakwate nʼomutima gwange gwonna.

Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna, emirembe nʼemirembe.

Kubanga nsanyukira amateeka go, era ngaagala.

Nkyawa nnyo abakola ebibi, abaleka amateeka go.

Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go, so seekunya.

Okubonerezebwa kwangasa, ndyoke njige amateeka go.

Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi okusinga enkumi nʼenkumi eza ffeeza ne zaabu.

Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu, kya mirembe gyonna.

Amateeka go nga ngagala nnyo! Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.

Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo! Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gwʼenjuki.

Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera; kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.

Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange, era kye kimulisa ekkubo lyange.

Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo ennaku zonna ezʼobulamu bwange.

Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu, mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.

Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo; weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.

Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako kyʼokola, kubanga amateeka go gamenyeddwa.

Amaziga gakulukuta mu maaso gange ngʼomugga, olwʼabo abatakwata mateeka go.

Nnyiikadde nnyo munda yange, olwʼabalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.

Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.

Obutuukirivu bwo bwa lubeerera, nʼamateeka go ga mazima.

Seebaka ekiro kyonna nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.

Ebigambo byo byonna bya mazima meereere; nʼamateeka go ga lubeerera.

Abafuzi banjigganyiza bwereere, naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.

Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana ngʼoyo afunye obugagga obungi.

Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama, era amateeka go lye ssanyu lyange.

Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu, ne ntendereza erinnya lyo olwʼokwagala kwo nʼolwʼobwesigwa bwo; kubanga wagulumiza ekigambo kyo nʼerinnya lyo okusinga ebintu byonna.

Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, naye abasirusiru banyooma amagezi nʼokulagirirwa.

Mulituusa ddi mmwe abʼamagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga byʼamagezi, nammwe abʼamalala okunyoomanga ebyʼamagezi nʼabasirusiru okukyawanga okumanya?

Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, nʼokumanya, era ne bamalirira obutatya Mukama. Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange; ne banyooma okunenya kwange kwonna. Kyebaliva balya ebibala ebyʼekkubo lyabwe ebbi, era ne bajjula ebibala ebyʼenkwe zaabwe.

era nʼossaayo omwoyo eri amagezi, era nʼossa omutima gwo eri okutegeera, ddala ddala singa oyaayaanira okumanya era nʼoyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera, bwʼonooganoonyanga nga ffeeza, era nʼoganoonyanga ngʼekyobugagga ekyakwekebwa, awo wʼolitegeerera okutya Mukama, era nʼovumbula okumanya Katonda.

Amazima nʼekisa tobyerabiranga; byesibe mu bulago bwo, obiwandiike ku mutima gwo.

Weesige Mukama nʼomutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka.

Funa amagezi; funa okutegeera, teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange, Togalekanga, nago ganaakukuumanga, gaagale nago ganaakulabiriranga.

Mutabani wange wuliriza nʼobwegendereza ebigambo byange; osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza; Ebigambo bino tebikuvangako, bikuumire ddala mu mutima gwo,

Amaaso go gatunulenga butereevu, era otunulenga nʼobumalirivu eyo gyʼolaga. Ttereeza bulungi amakubo go; okwate amakubo ageesigika gokka. Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono; ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.

Kubanga amateeka ttabaaza, era nʼokuyigiriza kitangaala, okukulabula olwʼokukuluŋŋamya, lyʼekkubo eryʼobulamu,

Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi; nkyawa amalala nʼokwemanya, nʼobuteeyisa bulungi nʼenjogera eyʼobubambaavu.

Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye nenya owʼamagezi naye anaakwagalanga.

“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era nʼokumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

Okutya Mukama ye nsulo yʼobulamu, kuleetera omuntu okwewala emitego gyʼokufa.

Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu, era nʼokufuna okutegeera kikira ffeeza!

Totegana kubuulirira musirusiru, kubanga ajja kunyooma ebigambo byo ebyʼamagezi.

Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama, nʼokusaba kwe tekukkirizibwa.

Buli kigambo kya Katonda kya mazima, era aba ngabo eri abo abamwesiga. Toyongeranga ku bigambo bye, alemenga okukunenya naawe olabike ngʼomulimba.

Kale byonna biwuliddwa; eno yʼenkomerero yaabyo: Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge, kubanga ekyo omuntu kyʼagwanira okukola.

Kale ngʼolulimi lwʼomuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu, era ngʼomuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro, bwe gityo nʼemirandira gyabwe bwe girivunda, era nʼebimuli byabwe bifuumuuke ngʼenfuufu; kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda owʼEggye, era ne banyooma ekigambo kyʼOmutukuvu wa Isirayiri.

Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti, ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga, nʼokulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’

Tudde eri amateeka nʼobujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.

Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande, okiwandiike ku mizingo, kibabeererenga obujulizi obwʼemirembe nʼemirembe mu nnaku ezigenda okujja. Weewaawo bano bantu bajeemu, baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama. Bagamba abalabi nti, “Temuddayo kufuna kwolesebwa,” Nʼeri bannabbi boogera nti, “Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu. Mututegeeze ebitusanyusa, mulagule ebituwabya. Muve mu kkubo lino, mukyame muve ku luguudo luno, mulekeraawo okututegeeza ku Mutukuvu wa Isirayiri.” Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Olwʼokugaana obubaka buno, ne mwesiga okunyigirizibwa, ne mwesiga omulimba, ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu, alimu enjatika era azimbye, okutemya nʼokuzibula ngʼagudde.

Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”

Ani akkiriza ebigambo byaffe, era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?

“Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe era nʼamakubo gammwe si ge makubo gange,” bwʼayogera Mukama. “Ngʼeggulu bwe liri waggulu okukira nʼensi, bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo nʼamakubo gammwe, nʼebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.

bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri; tekiriddayo bwereere, naye kirikola ekyo kye njagala era kirituukiriza ekyo kye nakituma.

Bwʼokaabanga nga weetaaga obuyambi, leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule; naye empewo eribatwala, omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna. Naye oyo anfuula ekiddukiro kye alirya ensi era alitwala olusozi lwange olutukuvu.”

“Era, eno yʼendagaano yange gye nkola nabo,” bwʼayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era nʼebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa kʼabaana bo, wadde mu kamwa kʼabaana bʼabaana bo, okuva kaakano okutuusa nʼemirembe nʼemirembe,” bwʼayogera Mukama.

Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola, noolwekyo ebintu bino byonna byange?” bwʼayogera Mukama Katonda. “Ono ye muntu gwe ntunulako; oyo owʼeggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo, oyo akankanira ekigambo kyange.

Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira, mbaleeteko kye batandyagadde kibatuukeko. Kubanga bwe nayita, teri nʼomu yayanukula, bwe nnaayogera tebanfaako. Bakola ebibi mu maaso gange ne bagoberera ebitansanyusa.” Muwulirize ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abakankanira ekigambo kye. “Baganda bammwe abatabaagala era ababayigganya olwʼerinnya lyange babasekerera nti, ‘Leka Mukama alage obukulu bwe abalokole tulabe bwe musanyuka!’ Naye bo be banaakwasibwa ensonyi.

Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima? Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta, naye ne bagaana okukangavvulwa. Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga nʼamayinja; era bagaanyi okwenenya. Ne njogera nti, ‘Bano baavu abasirusiru. Kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama, amateeka ga Katonda waabwe.’

Wuliriza, ggwe ensi: laba, ndeeta akabi ku bantu bano, byʼebibala byʼenkwe zaabwe, kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange nʼetteeka lyange baligaanye.

Naye etteeka lino lye nabawa ligamba nti, ‘Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.’ Naye tebampulira wadde okunzisaako omwoyo, wabula bagoberera okuteesa kwʼemitima gyabwe egijjudde ebibi. Badda emabega so tebaalaga mu maaso.

Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa era balitwalibwa. Bagaanyi ekigambo kya Mukama, magezi ki ge balina?

Naye bwe mutaafeeyo, emmeeme yange eneekaabira mu kyama olwʼamalala gammwe; amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyini gakulukuse amaziga era ekisibo kya Mukama kijja kuwambibwa.

Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya, byali ssanyu era okujaguza kwʼomutima gwange. Kubanga mpitibwa linnya lyo, Ayi Mukama Katonda owʼEggye.

Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge, era alina omutima oguva ku Katonda.

Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa.

“Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ndireeta ku kibuga kino ne ku bubuga obukyetoolodde buli kikangabwa kyonna kye nakirangirirako, kubanga baakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera bigambo byange.’ ”

Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼeggye nti, “Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza: babajjuza essuubi ekyamu. Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe, so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.

“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ngʼennyondo eyasaayasa olwazi?” bwʼayogera Mukama.

Newaakubadde nga Mukama abaweerezza bannabbi be emirundi mingi, temuwulirizza wadde okufaayo.

Bagambe, bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Bwe mutampulirize ne mugoberera amateeka gange ge mbawadde, era bwe mutaawulirize bigambo bya baddu bange bannabbi, be mbatumidde emirundi emingi wadde nga temubafuddeeko, ndifuula enju eno nga Siiro era nʼekibuga kino ngʼekintu ekyʼokukolimirwa mu mawanga agʼensi.’ ”

Kaakano mukyuse amakubo gammwe nʼebikolwa byammwe mugondere Mukama Katonda wammwe. Olwo Mukama anaakyusa nʼataleeta bikangabwa byʼaboogeddeko.

Ddala kino Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri kyʼagamba nti, “Temukkiriza bannabbi nʼabalaguzi abali mu mmwe kubalimbalimba. Temussaayo mwoyo ku birooto byabwe bye babalootolola. Babategeeza obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Sibatumanga,” bwʼayogera Mukama.

Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja, lwe ndikola endagaano empya nʼennyumba ya Isirayiri era nʼennyumba ya Yuda. Teribeera ngʼendagaano eri gye nakola ne bajjajjaabwe bwe nabakwata ku mukono okubakulembera okubaggya mu nsi yʼe Misiri, kubanga baamenya endagaano yange nabo wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,” bwʼayogera Mukama. “Eno yʼendagaano gye nnaakola nʼennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bwʼayogera Mukama. “Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe, ne ngawandiika ku mitima gyabwe. Ndibeera Katonda waabwe, nabo balibeera bantu bange. Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we, oba omusajja muganda we ngʼagamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga bonna balimmanya, okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,” bwʼayogera Mukama. “Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, nʼekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”

“Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange yʼetali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya?

Banaayigirizanga abantu bange enjawulo wakati wʼekitukuvu nʼekitali kitukuvu, era nga babalaga enjawulo wakati wʼekirongoofu nʼekitali kirongoofu.

Abantu bange bazikiridde olwʼobutamanya.” “Kyemunaava mulema okubeera bakabona bange; era olwʼokulagajjalira etteeka lya Katonda wo, nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.

Zibasanze, kubanga bawabye ne banvaako. Baakuzikirira kubanga banjemedde. Njagala nnyo okubanunula, naye banjogerako ebyʼobulimba.

“Ekiseera kijja,” bwʼayogera Mukama Katonda, “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna, teriba njala ya mmere oba nnyonta yʼamazzi, naye eriba enjala yʼekigambo kya Katonda.

“Naye baagaana okuwuliriza ne bakakanyaza emitima gyabwe ne baziba nʼamatu gaabwe baleme okuwulira. Ne bakakanyaza emitima gyabwe ngʼejjinja, ne batawuliriza mateeka wadde ebigambo Mukama owʼEggye bye yaweereza nʼOmwoyo we mu mukono gwa bannabbi abʼedda. Mukama owʼEggye kyeyava abanyiigira ennyo. “ ‘Bwe nabakoowoola ne batafaayo, nange ne ŋŋaana okufaayo nga bankowodde,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.

Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”

“Temulowooza nti Najja okuggyawo amateeka ga Musa oba ebya bannabbi. Sajja okubiggyawo wabula okubituukiriza. Ddala ddala mbagamba nti Eggulu nʼensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira. Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, nʼayigiriza nʼabalala okukola bwe batyo, yʼalisembayo mu bwakabaka obwʼomu ggulu.

“Tewali nʼomu ayinza kuweereza baami babiri, kubanga alikyawako omu nʼayagala omulala oba aliwulirako omu nʼanyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona. ”

“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene nʼomulyango mugazi, nʼabalonda ekkubo eryo bangi. Kubanga omulyango mufunda, nʼekkubo eridda eri obulamu ffunda, era nʼabaliraba batono.”

“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obwʼomu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu byʼayagala. Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga ebyʼobunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola nʼebyamagero bingi mu linnya lyo.’ Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”

“Noolwekyo buli awulira ebigambo byange nʼabikola alifaananyizibwa ngʼomusajja owʼamagezi eyazimba enju ye ku lwazi. Enkuba nʼetonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye nʼetegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi. Naye buli awulira ebigambo byange nʼatabikola, alifaananyizibwa ngʼomusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu. Enkuba nʼetonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, nʼegwa, nʼokugwa kwayo ne kuba kunene.”

Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu, eyʼoku bigere byammwe. Ddala ddala mbagamba nti Ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olwo ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago.

“Buli muntu alinjatulira mu maaso gʼabantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. Na buli muntu alinneegaanira mu maaso gʼabantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

“Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga Nze tansaanira, nʼoyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga Nze naye tansaanira. Nʼoyo ateetikkenga musaalaba gwe nʼangoberera tansaanira. Omuntu ayagala ennyo obulamu bwe alibufiirwa, naye alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola. “Buli abasembeza, aba asembezezza Nze, ate asembeza Nze aba asembezezza oyo eyantuma.

Nʼabaddamu nti, “Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama ebyʼobwakabaka obwʼomu ggulu, naye bo tebaakiweebwa.

Kyenva njigiriza mu ngero, abalaba baleme okulaba, nʼabawulira baleme okuwulira wadde okutegeera. Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti, ‘Muliwulira naye temulitegeera nʼokulaba muliraba naye temulimanya. Kubanga omutima gwʼabantu bano gwesibye, nʼamatu gaabwe tegawulira bulungi. Nʼamaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba nʼamaaso wadde okuwulira nʼamatu, wadde omutima gwabwe okutegeera, ne bakyuka ne mbawonya.’ Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, nʼamatu gammwe kubanga gawulira. Ddala ddala mbagamba nti, Waaliwo bannabbi bangi, nʼabatuukirivu bangi abeegombanga okulaba ku bino bye mulaba, nʼokuwulira bye muwulira kyokka ne batafuna mukisa ogwo. “Noolwekyo muwulirize olugero Lwʼomulimi eyasiga ensigo. Ensigo eyagwa ku mabbali gʼekkubo efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo kya Katonda nʼatakitegeera era omulabe Setaani nʼajja nʼakimusikulako okuva ku mutima. Ensigo eyagwa ku lwaziyazi efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo amangwago nʼakyaniriza nʼessanyu, naye olwʼokuba nga talina mmizi mu ye, wa kaseera buseera, ennaku nʼokuyigganyizibwa bwe bijja olwʼekigambo, amangwago nʼagwa. Nʼensigo eyagwa mu maggwa efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kwʼebintu byʼensi nʼobugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala. Naye ensigo eyagwa ku ttaka eddungi efaanana ngʼomuntu awulira ekigambo nʼakitegeera, nʼabalira ddala ebibala, nʼabala ebibala amakumi asatu, oba nkaaga oba kikumi.”

Naye Yesu nʼaddamu nti, “Buli kisimbe Kitange ali mu ggulu kyʼataasimba kigenda kusimbulwa.

Naye Yesu nʼabagamba nti, “Olwʼobutamanya byawandiikibwa nʼobutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama.

Yesu nʼaddamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼobulamu bwo bwonna, nʼamagezi go gonna.’ Eryo lyʼetteeka eryʼolubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. Nʼeryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’ Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”

Era Enjiri eyʼobwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna nʼoluvannyuma enkomerero nʼeryoka etuuka.”

Eggulu nʼensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”

Awo Yesu nʼasemberera abayigirizwa be nʼabategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.

Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu nʼajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda, ngʼagamba nti, “Ekiseera kituukiridde, nʼobwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.”

Yesu nʼabagamba nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ekyama ekifa ku bwakabaka bwa Katonda ekyakisibwa abantu abalala abali ebweru waabwo.” “Balaba bulabi naye nga tebeetegereza, era nʼokuwulira bawulira naye tebategeera, si ku lwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.” “Kale obanga temutegedde makulu ga lugero luno olwangu bwe luti mulitegeera mutya endala ze ŋŋenda okweyambisa nga njigiriza? Omusizi asiga ekigambo yʼasiga. Ate ensigo ezaagwa ku mabbali gʼekkubo, be bawulira ekigambo, amangwago Setaani nʼajja nʼakibatwalako. Ate ensigo ezaagwa ku kyaziyazi, gyʼemitima gyʼabantu abawulira ekigambo amangwago ne bakyaniriza nʼessanyu. Naye tebalina mirandira, babeera bulungi okusooka, naye olutuukibwako ebizibu oba okuyigganyizibwa olwʼekigambo amangwago babivaako. Ate endala ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, naye okweraliikirira nʼokusikirizibwa ebyʼobugagga nʼokwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala. Ettaka eddungi gyʼemitima gyʼabantu abawulira ekigambo ne bakkiririza ddala era ne bavaamu ebibala, emirundi amakumi asatu, abalala emirundi nkaaga, nʼabalala kikumi.”

Yesu nʼawulira ebigambo ebyayogerwa wabula nʼagamba omukulu wʼekkuŋŋaaniro nti, “Totya, ggwe kkiriza bukkiriza.”

Bwe mutyo munyooma ekigambo kya Katonda mulyoke mutuukirize obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. Nʼebirala bingi ebiri ngʼebyo bye mukola.”

Awo Yesu nʼayita ekibiina wamu nʼabayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Obanga waliwo omuntu ayagala okungoberera, asaanidde okwefiiriza asitule omusaalaba gwe alyoke angoberere. Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Naye oyo awaayo obulamu bwe ku lwange ne ku lwʼEnjiri alibuwonya. Kale omuntu agasibwa ki singa alya ensi yonna, naye nʼafiirwa obulamu bwe? Omuntu ayinza kuweebwa ki, akiwanyise olwʼobulamu bwe? Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, nʼebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana wʼOmuntu alimukwatirwa ensonyi bwʼalijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”

Yesu nʼabaddamu nti, “Ekibaleetedde omutawaana bwe butamanya byawandiikibwa, ate nga nʼobuyinza bwa Katonda nabwo temubutegeera.

Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna.

Eggulu nʼensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe nʼemirembe.”

Nʼabagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna. Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga.

Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama nʼabeeranga nabo, nʼanywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ngʼabakozesanga ebyʼamagero.

Era naawe ennaku eri ngʼekitala erikufumita omutima, nʼebirowoozo byʼomu mitima gyʼabantu birimanyibwa.”

Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ ”

Ne beewuunya nnyo okuyigiriza kwe. Kubanga yayogeranga nga nnannyini buyinza.

“Lwaki mumpita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ so nga bye mbagamba si bye mukola? Buli ajja gye ndi nʼawulira ebigambo byange, nʼabikola, ka mbalage bwʼafaanana. Afaanana ngʼomuntu eyazimba ennyumba, eyasima omusingi wansi ennyo nʼatuuka ku lwazi. Amataba bwe gajja, ne gajjuza omugga tegaasobola kunyeenya nnyumba eyo kubanga yazimbibwa bulungi. Naye omuntu awuliriza ebigambo byange nʼatabikola, afaanana nʼomusajja eyazimba ennyumba ku ttaka nga tasimye musingi. Omugga bwe gwajjula, ne gwanjaala, ne gukuba ennyumba nʼegwa, era nʼokugwa kwʼennyumba eyo kwali kunene nnyo.”

Nʼabaddamu nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ebyama byʼobwakabaka bwa Katonda, naye abalala, njogera gye bali mu ngero, ‘bwe batunula baleme kulaba, bwe bawulira baleme kutegeera.’ “Kale, amakulu gʼolugero olwo ge gano: Ensigo kyʼekigambo kya Katonda. Ensigo ezaagwa ku mabbali gʼekkubo, be bawulira ekigambo, naye Setaani nʼajja nʼakibaggyako mu mutima gwabwe, si kulwa nga bakkiriza ne balokolebwa. Ezaagwa ku lwazi be bawulira ne basanyukira ekigambo, kyokka ne kitaba na mizzi. Be bakkiriza, naye okugezesebwa bwe kujja ne bagwa. Ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, naye okweraliikirira nʼobugagga nʼamasanyu gʼomu bulamu ne bibazisa, ne bataleeta bibala bikuze bulungi. Naye ezaagwa ku ttaka eddungi be bantu abalungi era abeesigwa, era bakuuma ekigambo ku mitima ne babala ebibala nʼobugumiikiriza.

Yesu nʼaddamu nti, “Mmange ne baganda bange be bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”

Era bonna nʼabagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere! Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe, alibufiirwa. Na buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibulokola. Kubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye nʼafiirwa obulamu bwe? Buli alinkwatirwa ensonyi, nze nʼebigambo byange, nʼOmwana wʼOmuntu, alimukwatirwa ensonyi, bwʼalijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.

Nʼagamba omusajja omulala nti, “Ngoberera.” Omusajja nʼaddamu nti, “Mukama wange, ndeka mmale okugenda okuziika kitange.” Yesu nʼamugamba nti, “Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda.” Nʼomulala nʼagamba Yesu nti, “Nnaakugobereranga Mukama wange. Naye sooka ondeke mmale okusiibula abʼomu maka gange.” Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate nʼatunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda.”

Naye Yesu nʼaddamu nti, “Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”

Ne wabaawo eyeewuunya nti, “Mukama waffe, abantu abalirokolebwa nga baliba batono?” Yesu nʼaddamu nti, “Mufube okuyingira mu mulyango omufunda kubanga mbagamba nti, bangi balyagala okuyingira naye tebalisobola.

“Omuntu bwʼanajjanga gye ndi, nʼatakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we nʼabaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange. Era oyo ateetikka musaalaba gwe nʼangoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.

“Yokaana Omubatiza bwe yali nga tannabuulira, amateeka nʼobubaka bwa bannabbi byabuulirwa. Naye okuva olwo obwakabaka bwa Katonda bubuulirwa, ne buli muntu ayitibwa abuyingiremu mu bwangu ddala. Naye kyangu eggulu nʼensi okuggwaawo okusinga nʼakatundu kʼennukuta emu eyʼamateeka okuggwaawo.

Naye Ibulayimu nʼamugamba nti, ‘Balina Musa ne bannabbi, kale bawulire abo.’ “Omugagga nʼaddamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ngʼava mu bafu, bajja kwenenya.’ “Awo Ibulayimu nʼamugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’ ”

Eggulu nʼensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.

Yesu nʼabagamba nti, “Nga muli bantu basirusiru! Mmwe abʼemitima eminafu egirwawo okukkiriza bannabbi bye baategeeza!

Nʼatandikira ku Musa nʼayitaayita mu bannabbi bonna ngʼagenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.

Nʼabagamba nti, “Nabategeeza nga nkyali nammwe nti Ebintu byonna ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bya bannabbi, ne mu Zabbuli, byali biteekwa okutuukirira.” Nʼalyoka asumulula emitima gyabwe, ne bategeera ebyawandiikibwa.

Kigambo yaliwo ngʼensi tennatondebwa. Kigambo yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda.

Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa nʼamazima.

Yesu bwe yamala okuzuukira abayigirizwa ne bajjukira nti kino kye yali ayogerako. Ne bakkiriza ebyawandiikibwa nʼebigambo Yesu bye yayogerako.

Naye obanga temukkiriza bwe mbabuulira ebyʼensi, kale munaasobola mutya okukkiriza bwe nnaababuulira ebyʼomu ggulu?

“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bwʼatyo nʼawaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya lyʼOmwana oyo omu yekka owa Katonda.

Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, nʼOmwoyo gwʼagaba tagerebwa.

Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”

Kubanga Katonda Mwoyo nʼabo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.”

“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, nʼakkiriza eyantuma, aba nʼobulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ngʼatuuse mu bulamu. Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi lyʼOmwana wa Katonda, era nʼabaliwulira baliba balamu.

Nʼekigambo kye tekiri mu mmwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma. Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti Muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira.

Mwoyo Mutukuvu yʼawa obulamu. Omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu.

Kyenvudde mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti Nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”

Awo Yesu nʼagamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala. Era mulitegeera amazima, nʼamazima galibafuula ba ddembe.”

Lwaki temutegeera bye njogera? Kubanga temwagala kuwulira bigambo byange. Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe byʼayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bwʼayogera ebyʼobulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe wʼabalimba. Naye kubanga njogera mazima kyemuva mutanzikiriza. Ani mu mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima, kiki ekibagaana okunzikiriza? Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”

Ddala ddala mbagamba nti, Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe nʼemirembe.”

Naye mmwe temunzikiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera.

Obanga abo abaweebwa ekigambo kya Katonda, yabayita bakatonda, ate ngʼEbyawandiikibwa tebidiba,

Buli eyeemalira ku bulamu bwe alibufiirwa, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno, alibusigaza mu bulamu obutaggwaawo. Oyo ampeereza, angoberere. Nze wʼendi nʼomuweereza wange wʼanaabeeranga era Kitange alimuwa ekitiibwa oyo ampeereza.”

Kyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza. Ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire ekigamba nti, “Mukama ani akkiriza bye tugamba? Ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?” Kyebaava batakkiriza kubanga nnabbi Isaaya yayongera nʼagamba nti, “Katonda yabaziba amaaso, era nʼabakakanyaza emitima, amaaso gaabwe galeme okulaba, era nʼemitima gyabwe gireme okutegeera, era gireme okukyuka, mbawonye.” Ebyo nnabbi Isaaya yabyogera kubanga yalaba ekitiibwa kye, era nʼamwogerako. Era waaliwo bangi ne mu bakulembeze bʼAbayudaaya abaamukkiriza. Naye olwʼokutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro. Kubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.

Kyokka buli agaana Nze era nʼagaana nʼebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olwʼenkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza.

Kubanga Nze bye njogera si byange, ku bwange, naye mbategeezezza ebya Kitange bye yandagira okubategeeza. Era mmanyi nti byʼalagira bwe bulamu obutaggwaawo. Noolwekyo kyʼaŋŋamba kye mbategeeza.”

Yesu nʼaddamu nti, “Nze kkubo, nʼamazima nʼobulamu. Tewali nʼomu ajja eri Kitange wabula ngʼayita mu Nze.

“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange,

Buli anjagala anaagonderanga ebiragiro byange; era kubanga anjagala, ne Kitange anaamwagalanga. Era nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”

Yesu nʼamuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye. Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma.

Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.

Naye Omwoyo owʼamazima, bwʼalijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo byʼawulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo.

Mbawadde ekigambo kyo, ensi nʼebakyawa kubanga si ba nsi nga Nze bwe siri wa nsi.

Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima.

Piraato nʼamubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?” Yesu nʼamuddamu nti, “Okyogedde nti ndi kabaka. Ekyo kye nnazaalirwa era kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Era abo bonna abaagala amazima bawulira eddoboozi lyange.”

Naye Peetero nʼabatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu.

Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula nʼobuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti Obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga.

Abayudaaya bʼomu Beroya baali balungi okusinga abʼe Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi nʼessanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti Bya mazima.

Naye abamu ne bakakanyaza emitima gyabwe ne bagaana, ne batandika nʼokwogera obubi ku Kkubo mu bibiina. Pawulo nʼabaviira, nʼatwala abakkiriza, ne bakuŋŋaaniranga mu kisenge kyʼessomero lya Tulaano buli lunaku.

Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo. Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga. Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana nʼekiro, ne mundeeta nʼamaziga.

‘Genda eri abantu bano obagambe nti, Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera nʼokulaba muliraba naye temulyetegereza. Kubanga omutima gwʼabantu bano gugubye. Nʼamatu gaabwe gazibikidde, nʼamaaso gaabwe gazibiridde. Si kulwa nga balaba nʼamaaso gaabwe, ne bawulira nʼamatu gaabwe, ne bategeera nʼemitima gyabwe, ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’

Nze Pawulo, omuddu wa Yesu Kristo, Mukama waffe Kristo, nayitibwa okuba omutume, eyayawulibwa okubuulira Enjiri ya Katonda, gye yasuubiriza mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu,

Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya nʼeri Omunnamawanga. Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa. Obutuukirivu obwo butuweebwa olwʼokukkiriza, olwʼokukkiriza kwokka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Katonda akkiriza abantu olwʼokukkiriza kwabwe, era ekyo kye kiribaweesa obulamu.” Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna nʼabakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo. Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu. Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kwʼensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo nʼobwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu byʼobutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza. Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza. Beeyita abʼamagezi ne bafuuka abasirusiru,

Kaakano olwo Omuyudaaya alina nkizo ki? Oba okukomolebwa kugasa ki? Kugasa nnyo mu ngeri nnyingi. Okusookera ddala, Abayudaaya be baateresebwa ebigambo bya Katonda. Kituufu nti abamu ku bo tebakkiriza bigambo ebyo. Obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda, olwʼokuba nga bo tebaalina kukkiriza? Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Olyoke otuukirire mu bigambo byo, era osinge bwʼosala omusango.”

Ngʼebyawandiikibwa bwe bigamba nti: “Tewali mutuukirivu nʼomu. Tewali ategeera wadde anoonya Katonda.

Kale amateeka tugaggyewo olwʼokukkiriza? Kikafuuwe. Tunyweza manyweze.

Naye kaakano tetukyafugibwa mateeka. Tuli bafu eri ebyo ebyali bitusibye, era tebitulinaako buyinza. Noolwekyo tuyinza okuweereza Katonda mu ngeri empya eya Mwoyo Mutukuvu, so si mu nkola enkadde eyʼamateeka.

Noolwekyo amateeka matukuvu, era nʼekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi.

Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe. Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu wʼamateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ngʼokwegomba kwange okwʼomubiri, mpeereza etteeka lyʼekibi.

Kubanga okulowooza ebyʼomubiri kya bulabe eri Katonda. Ebirowoozo ebyʼomubiri tebiyinza kuwulira mateeka ga Katonda.

Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere byʼabo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.” Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, “Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?” Noolwekyo okukkiriza kujja olwʼokuwulira ekigambo kya Kristo.

nga bwe kyawandiikibwa nti, “Katonda yabawa omwoyo ogwʼokubongoota, nʼaleetera amaaso gaabwe obutalaba, nʼamatu gaabwe obutawulira okutuusa leero.”

Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube nʼessuubi.

Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, nʼebyʼesittaza ebikontana nʼokuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega. Kubanga abantu ngʼabo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi ebyʼokuwaanawaana nga balimbalimba emitima gyʼabanafu.

Ekigambo kyʼomusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda.

Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera ebyʼamagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde agʼabafuzi abʼomu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera ebyʼamagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda nʼedda olwʼekitiibwa kyaffe;

era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okwʼamagezi gʼabantu, naye mu bigambo Omwoyo byʼayigiriza, ebintu ebyʼOmwoyo nga bikwatagana nʼebyʼOmwoyo. Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gyʼali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo. Naye omuntu owʼOmwoyo akebera ebintu byonna, naye tewali nʼomu amukebera.

Kubanga okukomolebwa si kintu era obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwata amateeka ga Katonda.

Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu. Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere.

Obanga waliwo atayagala Mukama, akolimirwe. Mukama waffe Yesu, jjangu!

Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa. Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola?

oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza bʼendagaano empya etali ya nnukuta wabula eyʼomwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu. Kale obanga obuweereza bwʼamateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa nʼekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olwʼekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako, kale obuweereza obwʼomwoyo tebulisinga nnyo okuba obwʼekitiibwa? Kuba obanga obuweereza bwʼokusalirwa omusango bwa kitiibwa, obuweereza bwʼobutuukirivu businga nnyo ekitiibwa.

Twaleka ebikisibwa ebyʼensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza yʼomuntu mu maaso ga Katonda. Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. Katonda wʼemirembe gino yazibikira ebirowoozo byʼabo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri eyʼekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda.

kyokka neeraliikirira nnyo ngʼantya nti Si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze nʼobutukuvu obuli mu Kristo.

Abantu ngʼabo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo. Naye ekyo tekyewuunyisa, kubanga Setaani yeefuula nga malayika owʼomusana.

Kubanga tetuyinza kuwakanya mazima, wabula tugawagira buwagizi.

Naye mbeewuunya kubanga mukyuka mangu okuva ku oyo, eyabayita olwʼekisa kya Kristo, naye ne mukyuka mangu okugoberera Enjiri endala. Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola nʼokukyusa Enjiri ya Kristo. Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bwʼabuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga. Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bwʼababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga.

abo tetwabawuliriza essaawa nʼemu, amazima gʼenjiri galyoke geeyongerenga mu mmwe.

Naye abo abafugibwa ebikolwa ebyʼamateeka, bafugibwa kikolimo; kubanga kyawandiikibwa nti, “Buli ataagobererenga byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kya mateeka, akolimiddwa.”

Kristo yatununula okuva mu kikolimo kyʼamateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.” Kale kaakano amawanga gaweebwe omukisa gwa Ibulayimu, mu Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa ekyʼOmwoyo olwʼokukkiriza.

Katonda yasuubiza Ibulayimu nʼOmwana we, naye tekigamba nti nʼabaana be ngʼabangi, naye yayogera ku omu, oyo ye Kristo.

ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olwʼokumukkiriza.

Kale kaakano nfuuse omulabe wammwe olwʼokubategeeza amazima?

ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe owʼekitiibwa, abawe Omwoyo owʼamagezi nʼokubikkulirwa mweyongere okumutegeera. Nnyongera okubasabira, amaaso gʼemitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi lyʼokuyitibwa kwammwe, nʼobugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu nʼabantu ba Katonda bonna.

Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ngʼabaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogwʼokuyigiriza okwʼabantu abakuusa, mu nkwe olwʼokugoberera enteekateeka eyʼobulimba.

Yaginaaza nʼamazzi, nʼagitukuza nʼekigambo kye,

Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, nʼekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala ekyʼOmwoyo,

Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi nʼokutegeera, mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo,

nga munyweza ekigambo kyʼobulamu gye bali, ndyoke mbeere nʼekyʼokwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa.

Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi eryʼEnjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.

Mwekuumenga walemenga kubaawo nʼomu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu byʼobulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obwʼabantu nʼebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo.

nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, nʼokutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa.

Nammwe mwagoberera Mukama waffe era ne mukola nga bwe twakolanga bwe mwakkiriza ekigambo wakati mu kubonaabona okungi nga mulina essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu,

Mumanyi nga bwe twabonaabonera e Firipi, nʼokuyisibwa obubi kyokka ne tugumira mu Katonda waffe ne tubategeeza Enjiri ya Katonda nga tuli mu kuwakanyizibwa okungi.

Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwawulira ekigambo ekiva gye tuli, temwakiwulira ngʼekiva eri abantu wabula ngʼekiva eri Katonda, nga kyʼekigambo kya Katonda kyennyini, ekikolera ne mu mmwe, abakkiriza.

Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bwʼaliva mu ggulu, ne bamalayika be abʼamaanyi, mu muliro ogwaka, nʼabonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu. Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe nʼemirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, nʼekitiibwa kyʼamaanyi ge.

Olwo omuntu owʼobujeemu alyoke alabisibwe, Mukama waffe Yesu gwʼalimalawo nʼomukka ogwʼomu kamwa ke nʼamuzikiriza nʼokulabisibwa kwʼokujja kwe. Omuntu oyo alijjira mu maanyi ga Setaani gonna nʼakola obubonero nʼebyʼamagero, ebyʼobulimba, era nʼobulimba obwa buli ngeri obwʼobutali butuukirivu eri abo abazikirizibwa, kubanga bagaana okukkiriza amazima okulokolebwa. Katonda kyava abawaayo eri okubuzibwabuzibwa okwʼamaanyi bakkirize ebyʼobulimba. Era bonna balyoke basalirwe omusango olwʼokukkiriza obulimba, ne bagaana amazima ne basanyukira okukola ebitali bya butuukirivu.

Tumanyi ngʼamateeka malungi, omuntu bwʼagakozesa mu ngeri entuufu. Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, nʼabatatya Katonda, nʼabatali batukuvu, nʼabagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era nʼabatta abantu abalala, nʼabenzi, nʼabalya ebisiyaga, abagula nʼabatunda abaddu, abalimba nʼabalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu, ngʼEnjiri eyʼekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bwʼeri.

Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe, ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima.

kyokka bwe ndirwa omanye byʼosaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi nʼomusingi ebyʼamazima.

Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti Mu nnaku ezʼoluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, nʼenjigiriza ya baddayimooni,

Bwʼonootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ngʼoliisibwa nʼebigambo ebyʼokukkiriza, nʼenjigiriza ennungi gye wagoberera.

Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu nʼokubuuliriranga, nʼokuyigiriza okutuusa lwe ndijja.

Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu byʼoyigiriza era obinywerereko. Bwʼonookola bwʼotyo olyerokola ggwe wennyini, era nʼabo abakuwulira.

Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olwʼEnjiri ngʼoyambibwa amaanyi ga Katonda,

Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Obanga tumwegaana era naye alitwegaana.

Fubanga okweraga ngʼosiimibwa Katonda, ngʼoli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo eryʼobubaka obwʼamazima.

Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, nʼokuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza, era aluŋŋamya nʼobwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima,

abayiga bulijjo, kyokka ne batatuuka ku kutegeerera ddala amazima,

Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula owʼamagezi, nʼolokolebwa olwʼokukkiriza Kristo Yesu. Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, omuntu wa Katonda alyoke abe ngʼatuukiridde, ngʼalina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

buuliranga ekigambo kya Katonda, ngʼoli mwetegefu mu kiseera ekituufu nʼekitali kituufu, ngʼolaga ebikwekeddwa, ngʼonenya, ngʼozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, nʼokubonaabona okungi, nʼokuyigiriza. Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olwʼokugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira. Baligaana okuwuliriza ebyʼamazima, ne bagoberera enfumo obufumo.

Ateekwa okuba omuntu anywerera ku kigambo ekyesigwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, nʼokulaga obukyamu bwʼabo abagiwakanya.

Kye yagamba kya mazima. Noolwekyo oteekwa okubanenya nʼamaanyi kiryoke kibaleetere okukkiriza okutuufu,

Naye ggwe yogeranga ebyo ebitayawukana na njigiriza entuufu.

Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si ku lwa nga tuwaba ne tubivaako. Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era nʼajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira, ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira.

Noolwekyo nga Mwoyo Mutukuvu bwʼagamba nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, temukakanyaza mitima gyammwe, nga bali bwe baajeema, ku lunaku lwe bagezesaako Katonda mu ddungu. Bajjajjammwe bangezesa, ne balaba bye nakola mu myaka amakumi ana. Kyennava nsunguwalira omulembe ogwo, ne njogera nti Bulijjo baba bakyamu mu mitima gyabwe, era tebamanyanga makubo gange. Nasunguwala ne ndayira nti, Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.” Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogwʼobutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu.

Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa. Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti, “Nasunguwala ne ndayira nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ” Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kwʼensi.

Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala ekyʼobwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme nʼomwoyo, nʼennyingo nʼobusomyo, era kyawula ebirowoozo nʼokufumiitiriza kwʼomutima. Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.

Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi ebyʼomu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, ne bamanya obulungi bwʼekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi agʼemirembe egigenda okujja, naye ne bava ku Katonda. Baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu.

“Eno yʼendagaano gye ndiragaana nʼennyumba ya Isirayiri, oluvannyuma lwʼennaku ezo, bwʼayogera Mukama. Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe, nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.

“Eno yʼendagaano gye ndikola nabo, oluvannyuma lwʼennaku ezo, bwʼayogera Mukama. Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe, era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”

Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olwʼekibi. Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogwʼekibonerezo ekyʼomuliro ogwʼamaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda. Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza. Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era nʼomusaayi gwʼendagaano ogunaazaako ebibi nʼaguyisa ngʼogwa bulijjo, era nʼanyoomoola Omwoyo owʼekisa, talibonerezebwa nʼobukambwe obusingawo?

Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era nʼabo abamunoonya nʼobwesigwa abawa empeera.

Kale mugonderenga oyo ayogera nammwe. Obanga Abayisirayiri tebaayinza kulokoka, bwe baagaana okuwulira oyo eyabalabula ngʼali ku nsi, tetuliyisibwa bubi nnyo nʼokusingawo, bwe tulijeemera ekigambo kyʼoyo owʼomu ggulu atulabula?

Kubanga ddala, “Katonda waffe, gwe muliro ogwokya.”

Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

Kale mulekenga emize gyonna, nʼekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize nʼobuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe. Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba. Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye nʼatakigondera, afaanana ngʼomuntu eyeeraba mu ndabirwamu; bwʼava mu ndabirwamu, amangwago ne yeerabira nga bwʼafaananye.

Mmwe abenzi temumanyi ngʼokuba mikwano gyʼensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bwʼalondawo okuba mukwano gwʼensi afuuka mulabe wa Katonda. Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira nʼokwagala okujjudde obuggya”? Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti, “Katonda alwana nʼabʼamalala naye abawombeefu abawa ekisa.” Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi bʼebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, nʼessanyu lifuuke okunakuwala. Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olwʼokukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana nʼomutima ogutaliimu bukuusa. Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era ekyʼolubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. Kubanga, “Abantu bonna bali ngʼomuddo, nʼekitiibwa kyabwe kiri ngʼekimuli kyʼomuddo. Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa. Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.” Era ekigambo ekyo yʼEnjiri eyababuulirwa.

Ngʼabaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata agʼomwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe,

Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza, naye eri abatakkiriza “Lye jjinja abazimbi lye batasaako mwoyo, lyʼeryo eryafuuka eryʼoku nsonda.” Era “Lye jjinja abantu lye beekoonako, lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe kyʼateekebwateekebwa.

Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ngʼatandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?

Ffe bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu, twawulirira ddala eddoboozi eryo eryava mu ggulu. Kyetuvudde tweyongera okukakasa ebyo bannabbi bye baategeeza, era bwe munaabigonderanga munaabanga mukoze bulungi. Kubanga biri ngʼettaala eyaka mu kizikiza okutuusa obudde lwe bukya, emunyeenye eyʼenkya nʼeryoka eyaka mu mitima gyammwe. Okusooka mukimanye nga buli bunnabbi obuli mu byawandiikibwa, tewali ayinza kubunnyonnyola ku bubwe yekka. Kubanga bannabbi tebaayogeranga byabwe ku bwabwe, wabula baategeezanga ebyo Katonda bye yabalagiranga nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabibawanga.

Naye waaliwo ne bannabbi abʼobulimba mu bantu, era nga bwe walibaawo abayigiriza abʼobulimba mu mmwe. Baliyingiza mu nkiso enjigiriza enkyamu etwala abantu mu kuzikirira. Balyegaana ne Mukama waffe, ne beereetako okuzikirira okwa mangu. Abantu bangi baligoberera empisa zaabwe ezʼobukaba ne bavumaganyisa ekkubo eryʼamazima; balibafunamu amagoba mangi nga bakozesa ebigambo ebyʼobulimba olwʼomululu gwabwe. Abo Katonda yabasalira dda omusango era nʼokuzikirizibwa kwabwe tekubuusibwabuusibwa.

Weewaawo ebbaluwa ze zirimu bingi ebizibu okutegeera, kyokka buli lwʼawandiika aba ayogera ku nsonga ezo; wabula bo abatamanyi era abatali banywevu babinnyonnyola nga bwe bannyonnyola ebyawandiikibwa ebirala ne beereetako okuzikirira. Kale, mmwe abaagalwa, ebyo nga bwe mubitegedde, mwekuume muleme kukyamizibwa abantu abo abajeemu, si kulwa nga babaleetera okugwa ne muva we munyweredde.

Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera. Kyokka oyo agamba nti amutegeera nʼatakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima. Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ngʼokwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye. Oyo agamba nti Ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.

Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi abʼobulimba bangi mu nsi.

Naye ffe tuli bantu ba Katonda, era buli amanyi Katonda atuwuliriza; atali wa Katonda tatuwuliriza. Eyo yʼengeri gye tusobola okwawulamu omwoyo ogwʼamazima nʼomwoyo ogwʼobulimba.

Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola byʼatulagira.

Kale buli akkiririza mu Mwana wa Katonda akyetegeezeza ddala ye yennyini. Oyo atakkiririza mu Katonda ngʼamufudde mulimba, kubanga takkiriza ekyo Katonda kyʼayogera ku Mwana we.

Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.

Buli asukka ku ebyo Kristo byʼayigiriza nʼatabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe nʼOmwana. Omuntu yenna bwʼajja gye muli, nʼatayigiriza bwʼatyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, nʼokulamusa temumulamusanga. Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.

Naye njagala okubajjukiza nti newaakubadde nga byonna mubimanyi, nga olunaku lumu Mukama yalokola eggwanga nʼaliggya mu nsi yʼe Misiri, oluvannyuma nʼazikiriza abatakkiriza,

Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ngʼalina ekitala ekyogi ekyʼobwogi obubiri mu kamwa ke; nʼekyenyi kye nga kiri ngʼenjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo.

nti Mmanyi ebikolwa byo nʼokugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ngʼogezesezza abo abeeyita abatume nʼobavumbula nga balimba.

Noolwekyo weenenye, bwʼotookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo nʼekitala ekyʼomu kamwa kange.

Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange. Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso nʼotomanya ngʼoli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe wʼamaaso era ali obwereere.

Awo ogusota, nga gwonna gujjudde obusungu bungi, ne gugenda okulumba abaana bʼomukazi abalala, abo bonna abaali bakwata amateeka ga Katonda era nga bajulira Yesu. Ne guyimirira ku lubalama lwʼennyanja.

Awo ne ndaba malayika omulala ngʼabuukira mu bbanga ngʼalina Enjiri eyʼemirembe nʼemirembe eyʼokubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi nʼabantu. Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja, nʼensulo zʼamazzi zonna.”

Ani ataakutye Ayi Mukama, nʼatagulumiza linnya lyo? Ggwe wekka gwe Mutukuvu, amawanga gonna galijja ne gasinziza mu maaso go, Kubanga ebikolwa byo ebyʼobutuukirivu birabise.”

Amaaso ge gaali ngʼolulimi lwʼomuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ngʼalina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga yʼalimanyi. Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ngʼerinnya lye ye Kigambo wa Katonda.

Mu kamwa ke mwavaamu ekitala ekyʼobwogi ekyʼokutemesa amawanga. “Alibafuga nʼomuggo ogwʼekyuma.” Alirinnya ku ssogolero lyʼomwenge ogwʼobusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna.

Abaasigalawo ne battibwa nʼobwogi bwʼekitala ekyava mu kamwa kʼoyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ezʼomu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.

Ntegeeza buli omu awulira ebigambo ebyʼobunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo byʼobunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogwʼobulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.

Luganda - Oluganda - LG

LGCB - Bayibuli Entukuvu Luganda Contemporary Bible - 2014

This Bible text is from Biblica Open Luganda Contemporary Bible 2014
https://open.bible/bibles/ganda-biblica-text-bible/
provided by: Biblica Inc, available by Creative Commons CC-BY-SA-4.0,
and this new compilation is shared as www.creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0.
Languages are made available to you by www.ipedge.net