04 – Okutonda
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Okutonda.
Bino bye bigambo ebitukuvu ebya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Tetufaayo ku bigambo ebiyiiya abantu.
Ku muntu yenna ayagala Katonda... kino Katonda ky’ayogera ku: Okutonda.
Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu nʼensi.
”Naye Katonda agiwa omubiri nga bwʼayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo. Kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo omubiri ogwʼabantu, waliwo ogwʼensolo, waliwo ogwʼennyonyi, era waliwo nʼogwʼebyennyanja.
”Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kwʼensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo nʼobwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu byʼobutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.
”Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu nʼensi. Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, nʼOmwoyo wa Katonda ngʼatambulira ku mazzi. Awo Katonda nʼagamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu. Katonda nʼalaba obutangaavu nga bulungi; nʼayawula obutangaavu nʼekizikiza. Katonda obutangaavu nʼabuyita emisana, nʼekizikiza nʼakiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwʼolubereberye.
”Era Katonda nʼagamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu nʼamazzi.” Bwʼatyo Katonda nʼakola ebbanga okwawula wansi nʼamazzi agali waggulu. Ne kiba bwe kityo. Katonda ebbanga nʼaliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.
”Awo Katonda nʼayogera nti, “Amazzi agali wansi wʼeggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo. Katonda olukalu nʼaluyita ensi, amazzi agakuŋŋaanye go nʼagayita ennyanja. Katonda nʼalaba nga kyʼakoze kirungi. Awo Katonda nʼagamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egyʼebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo. Ensi nʼereeta ebimera: ebimera ebyʼensigo ebya buli ngeri, nʼemiti egyʼebibala ebya buli ngeri nʼebijja ku nsi. Katonda nʼalaba nga kyʼakoze kirungi. Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.
”Awo Katonda nʼagamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga lyʼeggulu, okwawula emisana nʼekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, nʼennaku, nʼemyaka. Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo. Katonda nʼakola ebyaka ebinene bibiri, ekyaka ekisinga obunene kifugenga emisana, nʼekitono kifugenga ekiro, nʼakola nʼemmunyeenye. Awo Katonda nʼabiteeka mu bbanga lyʼeggulu byakenga ku nsi, enjuba efugenga emisana, omwezi gufugenga ekiro, era byawulenga obutangaavu nʼekizikiza. Katonda nʼalaba ngʼekyo kirungi. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokuna.
”Katonda nʼayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja byʼebiramu, nʼebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.” Bwʼatyo Katonda nʼakola ebitonde ebyʼomu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri ekyʼomu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda nʼalaba nga kyʼakoze kirungi. Bwʼatyo Katonda nʼabiwa omukisa nʼagamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi gʼennyanja, nʼebinyonyi byale ku nsi.” Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano.
”Katonda nʼayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, nʼebyewalula, nʼensolo ezʼomu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali. Katonda nʼatonda ensolo ezʼoku nsi eza buli ngeri, nʼente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku ttaka ekya buli ngeri. Katonda nʼalaba nga kyʼakoze kirungi.
”Awo Katonda nʼagamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja ebyʼomu nnyanja, nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga, nʼensolo zonna, nʼensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.” Bwʼatyo Katonda nʼatonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera; nʼabatonda omusajja nʼomukazi. Katonda nʼabawa omukisa, nʼabagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.” Awo Katonda nʼagamba nti, “Laba mbawadde buli kimera ekyʼensigo ekiri ku nsi na buli muti ogwʼensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga. Mbawadde na buli nsolo eyʼoku nsi, na buli kinyonyi ekyʼomu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali. Awo Katonda nʼalaba byonna byʼakoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.
”Bwe bityo eggulu nʼensi awamu ne byonna ebigirimu ne biggwa okukolwa. Ku lunaku olwʼomusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; nʼawummulira ku lunaku olwo ngʼava ku mirimu gye gyonna gye yakola. Bwʼatyo Katonda olunaku olwʼomusanvu nʼaluwa omukisa nʼalutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda.
”Ebyo byʼebifa ku ggulu nʼensi nga bwe byatondebwa: Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu nʼensi, tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu owʼokulima ettaka. Naye ensulo nʼeva mu ttaka nʼefukirira ensi yonna. Mukama Katonda nʼakola omuntu okuva mu nfuufu eyʼoku nsi nʼamufuuwa mu nnyindo omukka ogwʼobulamu. Omuntu nʼaba omulamu. Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olwʼebuvanjuba, omuntu gwe yabumba nʼamuteeka omwo.
”Luno lwe lulyo lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda. Yabatonda omusajja nʼomukazi, nʼabawa omukisa nʼabatuuma, “abantu.” Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, nʼazaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, nʼamutuuma Seezi.
”Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama Katonda mwe yakolera eggulu nʼensi, nʼennyanja, ne byonna ebibirimu, nʼawummulira ku lunaku olwʼomusanvu. Mukama kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti nʼalutukuza.”
”Kanaabeeranga kabonero wakati wange nʼabaana ba Isirayiri emirembe gyonna, akalaga nti Katonda yakola eggulu nʼensi mu nnaku mukaaga, ne ku lunaku olwʼomusanvu nʼalekeraawo okukola, nʼawummula.’ ”
”Naye nno mu mazima ddala nga bwe ndi omulamu, era ngʼekitiibwa kya Mukama Katonda bwe kijjuza ensi yonna,
”“Kale, weebuuze leero ku byafaayo ebyʼebiro ebyʼedda, nga naawe tonnabeerawo, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonderako omuntu nʼamuteeka ku nsi; weebuuze okuva ku luuyi olumu olwʼeggulu okutuuka ku luuyi olulala. Waali wabaddewo ekintu ekikulu nga kino, oba waali wabaddewo akiwulirako?
”Laba, Mukama Katonda wo ye nannyini ggulu, era nʼeggulu erisinga okuba waggulu ennyo nalyo lirye, nʼensi ne byonna ebigirimu.
”Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu; asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu yʼevvu; nʼabatuuza nʼabalangira, era ne basikira entebe eyʼekitiibwa. Kubanga emisingi gyʼensi gya Mukama Katonda, era okwo kwʼatuuzizza ensi.
”Ebiwonvu ebyʼomu nnyanja ne bibikkulwa nʼemisingi gyʼensi ne gyeruka olwʼokunenya kwa Mukama nʼolwʼokubwatuka kwʼomukka ogwʼomu nnyindo ze.
”Keezeekiya nʼasaba eri Mukama ngʼagamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda owʼobwakabaka bwonna obwʼensi, era ggwe wakola eggulu nʼensi.
”Obukulu, nʼamaanyi, nʼekitiibwa, nʼobuwanguzi, nʼokugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda, kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda, era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.
”Ggwe wekka, ggwe Mukama, era ggwe wakola eggulu, nʼeggulu erya waggulu, nʼeggye lyalyo lyonna, nʼensi nʼebigirimu byonna, nʼennyanja nʼebigirimu byonna. Buli kintu gwʼokiwa obulamu, era nʼeggye eryʼomu ggulu likusinza.”
”Ensi aginyeenya nʼeva mu kifo kyayo era nʼakankanya empagi zaayo. Ayogera eri enjuba ne teyaka, akugira nʼalemesa ekitangaala kyʼemmunyeenye okulabika. Ye yekka abamba eggulu era nʼatambulira ku mayengo gʼennyanja. Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga, nʼebibinja ebyʼemunyeenye ebyʼobukiikaddyo. Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola, nʼakola nʼebyamagero ebitabalika.
”Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza, oba ebinyonyi ebyʼomu bbanga binaakubuulira. Oba yogera nʼettaka linaakusomesa oba ebyennyanja ebyʼomu nnyanja binaakunnyonnyola. Biki ku bino ebitamanyi nti, omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo? Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe, na buli mukka ogussibwa abantu bonna.
”Ayanjuluza eggulu eryʼobukiikakkono mu bbanga ejjereere, awanika ensi awatali kigiwanirira. Asiba amazzi mu bire bye; ate ebire tebyabika olwʼokuzitoowererwa. Abikka obwenyi bwʼomwezi, agwanjululizaako ebire bye. Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi gʼennyanja we gayita, ngʼensalo eyawula ekitangaala nʼekizikiza. Empagi zʼeggulu zikankana, zeewuunya olwʼokunenya kwe.
”Omwoyo wa Katonda ye yankola, era omukka gwʼoyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.
”Mukama nʼaddamu Yobu ngʼayita mu muyaga, nʼayogera nti, “Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange, nʼebigambo ebitaliimu magezi? Yambala ebyambalo byo ngʼomusajja, mbeeko bye nkubuuza naawe onziremu.” “Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gyʼensi? Mbuulira bwʼoba otegeera. Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ngʼomanyi! Oba ani eyagipima nʼolukoba? Entobo zaayo zaateekebwa ku ki? Emunyeenye ezʼoku makya bwe zaali ziyimba, era nʼabaana ba Katonda bonna nga baleekaana olwʼessanyu, ani eyasiba enzigi nʼaggalira ennyanja, bwe yava mu lubuto lwayo?” “Bwe nakolera ebire ekyambalo kyʼabyo, ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu, bwe nʼabiteekerawo we bikoma ne mbiteerako emitayimbwa nʼenzigi, bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo, era wano amayengo gammwe agʼamalala we ganaakoma,
”“Laba envubu gye natonda nga ggwe, erya omuddo ngʼente, ngʼerina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyayo amaanyi mangi mu binywa byʼolubuto lwayo. Ewuuba omukira gwayo ne guba ngʼomukira gwʼomuvule Ebinywa byʼebisambi byayo byakwatagana nnyo.
”Bwe ntunuulira eggulu lyo, omulimu gwʼengalo zo, omwezi nʼemmunyeenye bye watonda;
”Ebiwonvu ebyʼomu nnyanja ne bibikkulwa nʼemisingi gyʼensi ne gyeyerula olwʼokunenya kwo Ayi Mukama nʼolwʼokubwatuka kwʼomukka ogwʼomu nnyindo zo.
”Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda, ebbanga ne litegeeza emirimu gyʼemikono gye.
”Naye obubaka bwabyo bubunye mu nsi yonna. Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
”Zabbuli ya Dawudi Ensi ya Mukama nʼebigirimu byonna, nʼensi zonna nʼabo abazibeeramu. Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja, nʼagizimba ku mazzi amangi.
”Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa; nʼassiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna eryʼomu ggulu ne litondebwa.
”Eggulu liryo, nʼensi yiyo; ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu. Watonda obukiikakkono nʼobukiikaddyo; ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
”Ensozi nga tezinnabaawo, nʼensi yonna nga tonnagitonda; okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero yʼemirembe gyonna, ggwe Katonda.
”Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola; nʼemikono gye, gye gyabumba olukalu. Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
”Ku ntandikwa wassaawo omusingi gwʼensi; nʼeggulu gyʼemirimu gyʼemikono gyo. Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera. Byonna birikaddiwa ngʼebyambalo. Olibikyusa ngʼebyambalo, ne bisuulibwa.
”Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo; ojjudde obukulu nʼekitiibwa. Yeebika ekitangaala ngʼayeebikka ekyambalo nʼabamba eggulu ngʼeweema, nʼateeka akasolya kʼebisulo bye ebyʼoku ntikko kungulu ku mazzi; ebire abifuula amagaali ge, nʼeyeebagala ebiwaawaatiro byʼempewo. Afuula empewo ababaka be, nʼennimi zʼomuliro ogwaka abaweereza be. Yassaawo ensi ku misingi gyayo; teyinza kunyeenyezebwa.
”Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo! Byonna wabikola nʼamagezi agʼekitalo; ensi ejjudde ebitonde byo. Waliwo ennyanja, nnene era ngazi, ejjudde ebitonde ebitabalika, ebintu ebirina obulamu ebinene era nʼebitono.
”Mukama byʼakola bikulu; bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
”Mukama, eyakola eggulu nʼensi, abawe omukisa. Eggulu eryʼoku ntikko lya Mukama, naye ensi yagiwa abantu bonna.
”Luno lwe lunaku Mukama lwʼakoze; tusanyuke tulujagulizeeko.
”Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu nʼensi.
”Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, eyakola eggulu nʼensi.
”Mukama kyonna kyʼasiima kyʼakola, mu ggulu ne ku nsi; mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
”Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Oyo eyabamba ensi ku mazzi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Oyo eyakola ebyaka ebinene, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Enjuba yagikola okufuganga emisana, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Omwezi nʼemmunyeenye yabikola okufuganga ekiro, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
”Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze; ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange. Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri eyʼentiisa era eyʼekitalo; emirimu gyo gya kyewuunyo; era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
”eyakola eggulu nʼensi nʼennyanja ne byonna ebirimu, era omwesigwa emirembe gyonna.
”Mukama ategeka omuwendo gwʼemmunyeenye; era buli emu nʼagituuma erinnya.
”Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gyʼensi; nʼokutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;
”Mukama nze gwe yasooka okwoleka nga tannabaako kirala kyʼakola. Nateekebwawo dda nnyo, ku lubereberye ngʼensi tennabaawo. Nateekebwawo ngʼobuziba bwʼennyanja tebunnateekebwawo, nga nʼemigga egireeta amazzi teginnabaawo, ngʼensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo, nga nʼobusozi tebunnabaawo; nga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo, wadde enfuufu eyasooka eyʼoku nsi. Naliwo ngʼateekawo eggulu mu kifo kyalyo, ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba, ate ne bwe yawanika ebire nʼabinywereza waggulu mu bbanga, nʼanywereza ddala ensulo zʼamazzi, bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma, amazzi galeme kusukka we yagalagira, ne bwe yali ngʼalamba emisingi gyʼensi. Nnali naye ngʼomukozi omukugu, nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku, nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo, nga nsanyukira mu nsi ye yonna, era nga ne nesiima olwʼabaana bʼabantu.
”Okutu okuwulira nʼeriiso eriraba byombi Mukama ye yʼabikola.
”Buli omu yali ngʼayogera ne munne nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
”Tewalibeera kukolaganako bulabe wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu. Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda, ngʼamazzi bwe gajjuza ennyanja.
”Mufuula ebintu ne birabika ngʼomubumbi alowoozebwa okwenkanankana nʼebbumba. Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti, “Teyankola”? Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti, “Talina kyʼamanyi”?
”Ayi Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obwʼomu nsi, ggwe wakola eggulu nʼensi.
”Ani eyali ageze amazzi gʼennyanja mu kibatu kye, nʼapima eggulu nʼoluta, nʼapima enfuufu yʼoku nsi mu kibbo, oba nʼapima ensozi ku minzaani, nʼobusozi ku kipima?
”Temunnamanya, temunnawulira, temubuulirwanga okuva ku kutondebwa kwʼensi? Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu, era gyʼali abantu bali ngʼamayanzi. Atimba eggulu ngʼolutimbe era alibamba ngʼeweema eyʼokubeeramu.
”Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu. Ani eyatonda ebyo byonna? Oyo afulumya ebyaka ebyʼomu bbanga afulumya kina kimu, byonna nga bwe biri, nʼabiyita amannya gaabyo. Olwʼobukulu bwʼobuyinza bwe era kubanga wamaanyi ga nsusso, tewali na kimu kibulako.
”Tonnamanya? Tonnawulira? Mukama, ye Katonda ataliggwaawo. Omutonzi wʼenkomerero yʼensi. Tazirika so takoowa era nʼamagezi ge tewali nʼomu ayinza kugapima.
”Bwʼatyo bwʼayogera Mukama Katonda, eyatonda eggulu nʼalibamba. Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu; awa omukka abantu baakwo era nʼobulamu eri bonna abagitambulirako.
”Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange, gwe natonda olwʼekitiibwa kyange, gwe nakola gwe natonda.”
”Bwʼati bwʼayogera Mukama Omulokozi wo, eyakutondera mu lubuto. “Nze Mukama, eyatonda ebintu byonna, eyabamba eggulu nzekka, eyayanjuluza ensi obwomu,
”Bwʼati bwʼayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri era Omutonzi we nti, ‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja, oba ebikwata ku baana bange, oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gyʼemikono gyange?’ Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyʼennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira ebyʼomu bwengula byonna bitondebwewo.
”Kubanga bwʼatyo bwʼayogera Mukama eyatonda eggulu, ye Katonda eyabumba ensi nʼagikola. Ye yassaawo emisingi gyayo. Teyagitonda kubeera nkalu naye yagikola etuulwemu. Ye yagamba nti, Nze Mukama so tewali mulala.
”“Mpuliriza ggwe Yakobo. Isirayiri gwe nalonda. Nze Nzuuyo. Nze owʼolubereberye era nze owʼenkomerero. Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gwʼensi, era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu. Bwe mbiyita byombi bijja.”
”ne weerabira Mukama Omutonzi wo eyabamba eggulu, nʼateekawo nʼemisingi gyʼensi, ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya obusungu bwʼabo abakunyigiriza, oyo eyemalidde mu kuzikiriza? Kubanga kale buliruddawa obulabe bwʼoyo abanyigiriza?
”Ate ngʼera, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi, ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
”Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda, “Eggulu yʼentebe yange kwe nfugira nʼensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange, nnyumba ki gye mulinzimbira? Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu? Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola, noolwekyo ebintu bino byonna byange?” bwʼayogera Mukama Katonda. “Ono ye muntu gwe ntunulako; oyo owʼeggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo, oyo akankanira ekigambo kyange.
”Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu, era Kabaka owʼemirembe gyonna. Bwʼasunguwala, ensi ekankana, amawanga tegasobola kugumira busungu bwe. “Bwʼoti bwʼoba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi wʼeggulu.’ ” Mukama yakola ensi nʼamaanyi ge, nʼatonda ebitonde byonna nʼamagezi ge, era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.
”Nʼamaanyi gange amangi nʼomukono ogugoloddwa natonda ensi nʼabantu baamu nʼensolo ezigiriko, era ngiwa omuntu yenna gwe njagala.
”‘Ayi Mukama Katonda, ggwe wakola eggulu nʼensi nʼamaanyi go amangi ennyo, nʼomukono gwo ogugoloddwa. Tewali kintu na kimu kikulema.
”“Ensi yagikola nʼamaanyi ge; yagiteekawo nʼamagezi ge, nʼayanjuluza eggulu nʼokutegeera kwe.
”Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ngʼebizungirizi era afuula ekisiikirize okubeera enkya era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro, ayita amazzi gʼomu nnyanja ne gafukirira ensi ngʼenkuba, Mukama lye linnya lye.
”oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu, omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi, ayita amazzi gʼennyanja, nʼagayiwa wansi ku lukalu, Mukama lye linnya lye.
”Yona nʼagamba nti, “Ndi Mwebbulaniya; era nsinza Mukama, Katonda wʼeggulu eyakola eggulu nʼensi.”
”Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ngʼamazzi bwe ganjaala ku nnyanja.
”Kino kyʼekigambo kya Katonda ekikwata ku Isirayiri. Bwʼati bwʼayogera Mukama eyabamba eggulu era nʼassaawo emisingi gyʼensi, era nʼakola nʼomwoyo gwʼomuntu ogumulimu.
”Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja nʼomukazi.
”ne Kayinaani nga mwana wa Enosi, ne Enosi nga mwana wa Seezi, ne Seezi nga mwana wa Adamu, ne Adamu nga mwana wa Katonda.
”Kigambo yaliwo ngʼensi tennatondebwa. Kigambo yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda. Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda. Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo.
”Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera.
”Omukulu wʼabagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gyʼavudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, nʼayita omugole omusajja nʼamugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, nʼoluvannyuma ngʼabagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo nʼalyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gwʼosembezzaayo!”
”‘Eggulu yʼentebe yange eyʼobwakabaka. Nʼensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange. Mukama nʼagamba nti, Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki? Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
”“Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja nʼebintu byonna ebirimu.
”“Katonda oyo ye yakola ensi nʼebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama wʼeggulu nʼensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa nʼemikono gyʼabantu, era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini yʼawa buli muntu obulamu nʼomukka gwʼassa nʼebintu byonna. Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ngʼabaggya mu muntu omu, nʼabasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. Nʼateekateeka amawanga agalisituka nʼagaligwa, era nʼebbanga lye galimala. Era nʼagakolera nʼensalo zaago. Yakola bwʼatyo ngʼayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala. Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ngʼomu ku bawandiisi bammwe bwʼagamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’”
”Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kwʼensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo nʼobwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu byʼobutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.
”Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja wʼamawanga amangi.” Ye jjajjaffe mu maaso gʼoyo gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alaba ebitaliiwo ngʼebiriwo, era atonda ebintu ebiggya.
”Ekibi kyajja mu nsi olwʼomuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri yʼemu olwʼokuba nga bonna baayonoona, bonna balifa.
”Ebitonde birindirira nʼessuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa. Kubanga ebitonde tebyafugibwa butaliimu nga byeyagalidde, wabula ku bwʼoyo eyabifugisa, mu kusuubira. Ebitonde birifuulibwa bya ddembe okuva mu kufugibwa okuvunda ne bigabanira wamu nʼabaana ba Katonda ekitiibwa ekyʼokuba mu ddembe. Tumanyi ngʼebitonde byonna bisinda era ne birumwa ngʼomukazi alumwa okuzaala bwʼabeera.
”Kubanga byonna biva gyʼali, era biyita mu ye era bidda gyʼali. Ekitiibwa kibe gyʼali emirembe gyonna. Amiina.
”Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.
”Naye Katonda agiwa omubiri nga bwʼayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo. Kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo omubiri ogwʼabantu, waliwo ogwʼensolo, waliwo ogwʼennyonyi, era waliwo nʼogwʼebyennyanja.
”kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ngʼalina obulamu.” Kyokka Adamu owʼoluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu. Naye ekyʼomwoyo si kye kyasooka, wabula ekyʼomubiri obubiri kye kyasooka, nʼoluvannyuma ekyʼomwoyo ne kijja. Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu. Ngʼeyakolebwa mu nfuufu bwʼali, nʼabo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali.
”Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala ekyʼokumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.
”Katonda eyatonda ebintu byonna yayagala nnyambe buli muntu okutegeera ebyekyama ebyali bikwekeddwa mu Katonda.
”Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika nʼebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba abʼobuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa.
”naye mu nnaku zino ezʼoluvannyuma yayogera naffe ngʼayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi nʼebintu byonna ebirimu. Amasamasa nʼekitiibwa kya Katonda, era kyʼekifaananyi kye ddala bwʼali, era abeezaawo buli kintu olwʼekigambo kyʼamaanyi ge. Bwe yamala okukola ekikolwa ekyʼokututukuza okuva mu bibi, nʼatuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obwʼomu ggulu.
”Ayongera nʼagamba nti, “Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gwʼensi, era nʼeggulu mirimu gwa mukono gwo.
”Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba, naye Katonda ye yʼazimba buli kintu.
”Olwʼokukkiriza tumanyi ngʼensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika.
”Ekisooka, mutegeerere ddala nga mu nnaku ezʼoluvannyuma abantu abagoberera okwegomba kwʼomubiri gwabwe balijja mu mmwe nga babasekerera, nga bwe bagamba nti, “Eyasuubiza nti alijja, aluwa? Kubanga kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri nga bwe byabanga okuva ensi lwe yatondebwa!” Beefuula abatamanyi nti Edda Katonda yalagira bulagizi, era olwʼekigambo eggulu nʼensi ne bitondebwa. Olwʼekigambo kya Katonda ensi yatondebwa ngʼeggyibwa mu mazzi era nʼebeera wakati wʼamazzi. Era olwʼekigambo ekyo ensi eyo eyʼedda, amazzi gaagisaanyaawo nʼezikirira. Era olwʼekigambo ekyo, eggulu nʼensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olwʼokusalirako omusango, nʼokuzikirizibwa kwʼabo abatatya Katonda. Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ngʼolunaku olumu, era nʼolunaku olumu luli ngʼemyaka olukumi.
”“Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa nʼettendo nʼobuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”
”nʼalayira Oyo omulamu abeerera emirembe gyonna, eyatonda eggulu nʼebintu byonna ebirimu, nʼatonda nʼensi nʼebintu byonna ebigirimu, nʼatonda nʼennyanja ne byonna ebigirimu, ngʼagamba nti, “Tewaliba kulwa nate.
”Awo ne ndaba malayika omulala ngʼabuukira mu bbanga ngʼalina Enjiri eyʼemirembe nʼemirembe eyʼokubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi nʼabantu. Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja, nʼensulo zʼamazzi zonna.”
”